1Awo Mukama n'akoowoola Musa n'atumula naye mu weema ey'okusisinkanirangamu ng'akoba nti 2Tumula n'abaana ba Isiraeri obakobe nti Omuntu yenayena ku imwe bw'awangayo ekitone eri Mukama, mwakiwangayo okukitooka ku nsolo, ku nte no ku mbuli.3Oba ng'awaayo ekiweebwayo ekyokyebwa ku nte, yawangayo nume ebulaku buleme: yagiweerangayo ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, kaisi aikirizibwenga mu maiso ga Mukama. 4Era yateekanga engalo gye ku mutwe gw'ekiweebwayo ekyokyebwa; awo yamwikiririzibwanga okumutangirira.5Awo yaitiranga ente mu maiso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, baleetanga omusaayi, era bamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi gyonagyona ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 6Awo yabbaaganga ekiweebwayo ekyokyebwa era yakisalangamu ebitundu byakyo.7Awo abaana ba Alooni kabona bateekanga omusyo ku kyoto, ne batindikira enku ku musyo: 8awo abaana ba Alooni, bakabona, bateekateekanga ebifi, omutwe n'amasavu, ku nku egiri ku musyo oguli ku kyoto: 9naye ebyenda byayo n'amagulu gaayo yabinabyanga n'amaizi: awo kabona yayokyeryanga byonabyona ku kyoto, okubba ekiweebwayo ekyokyebwa ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo, eky'eivumbe eisa eri Mukama.10Era oba ng'awaayo ku kisibo, niikwo kukoba nti ku ntama oba ku mbuli, okuba ekiweebwayo ekyokyebwa; yawangayo nume ebulaku buleme. 11Era yagiitiranga ku luuyi lw'ekyoto olw'obukiika obugooda mu maiso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, bamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi gyonagyona.12Awo yagisalangamu ebifi byayo, awamu n'omutwe gwayo n'amasavu gaayo: awo kabona yabiteekateekanga ku nku egiri ku musyo oguli ku kyoto: 13naye ebyenda n'amagulu yabinaabyanga n'amaizi: awo kabona yawangayo yonayona, yagyokyeryanga ku kyoto: nokyo kiweebwayo ekyokyebwa ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo, eky'eivumbe eisa eri Mukama.14Era oba ng'awaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokyebwa eky'enyonyi, yawangayo bukaamukuukulu oba amayemba amatomato. 15Awo kabona yakaleetanga eri ekyoto, n'akanyoola omutwe n'agumenyaku, n'akookyerya ku kyoto; n'omusaayi gwako gwatonyeranga ku mbali kw'ekyoto:16awo yatoolangamu ekisakiro kyako awamu n'empitambibbi yaakyo, n'akisuula ku mbali kw'ekyoto ku luuyi olw'ebuvaisana, mu kifo eky'eikokevu: 17era yakakanulanga n'ebiwawa byako, takasalangamu: awo kabona yakookyeryanga ku kyoto, ku nku egiiri ku musyo: niikyo ekiweebwayo ekyokyebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo, eky'eivumbe eisa eri Mukama.
1Era omuntu yenayena bw'awangayo ekitone eky'obwita obuweebwayo eri Mukama ekitone kye kyabbanga kyo bwita busa: era yabufukangaku amafuta n'abuteekaku omusita: 2awo yakireeteranga abaana ba Alooni bakabona: yeena yakitoolangamu olubatu lwe olw'obwita obusa bwakyo n'olw'amafuta gaakyo, awamu n'omugavu gwakyo gwonagwona; awo kabona yabwokyanga okubba ekiijukiryo kyakyo ku kyoto, ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo, eky'eivumbe eisa eri Mukama: 3n'ekyo ekifiikawo ku kiweebwayo eky'obwita kyabbanga kya Alooni n'abaana be: niikyo ekintu ekitukuvu einu ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omusyo.4Era bw'owangayo ekitone eky'obwita obuweebwayo obwokyeibwe mu kabiga, kyabbanga emigaati egitazimbulukuswa egy'obwita obusa obutabwirwemu amafuta, oba egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigibwaku amafuta. 5Era oba ng'owaayo ekitone eky'obwita eky'omu kikalango, kyabbanga kya bwita bulungi obutazimbulukuswa obutabwirwemu amafuta.6Wakyawulangamu ebitundu, obufukeku amafuta: niikyo kiweebwayo eky'obwita. 7Era oba ng'owaayo ekitone eky'obwita eky'omu kikalango, kyakolebwanga n'obwita obusa wamu n'amafuta.8Awo waleetanga ekiweebwayo eky'obwita ekikolebwa n'ebyo eri Mukama: awo kyaleeterwanga kabona, yeena yakitwalanga eri ekyoto. 9Awo kabona yalobolanga ku kiweebwayo eky'obwita ekiijukiryo kyakyo, yakyokyeranga ku kyoto: ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo, eky'eivumbe eisa eri Mukama. 10N'ekyo ekyafiikangawo ku kiweebwayo eky'obwita kyabbanga kya Alooni n'abaana be: niikyo ekintu ekitukuvu einu ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omusyo.11Tewabbangawo kiweebwayo kya bwita, kye mwawangayo eri Mukama, ekikolebwa n'ekizimbulukusya: kubanga temwokyanga ekizimbulukusya kyonakyona, waire omubisi gw'enjoki gwonagwona, okubba ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama. 12Ebyo mwabiwangayo eri Mukama okubba ekitone eky'ebiberyeberye: naye tebiniinisibwanga ku kyoto okubba eivumbe eisa. 13Era buli kitone eky'obwita bw'ewawangayo wakirungangamu omunyu; so toikiriryanga ky'owaayo eky'obwita okubulwa omunyu ogw'endagaanu ya Katonda wo: awamu n'ebitone byo byonabyona wawangayo omunyu.14Era oba ng'owaayo ekiweebwayo eky'obwita eky'ebiberyeberye eri Mukama, wawangayo okubba ekiweebwayo eky'obwita eky'ebiberyeberye byo eŋaanu ng'ekaali ku biyemba eyokyebwa n'omusyo, eŋaanu embetentere ku biyemba ebibisi. 15Awo wagifukangaku amafuta, era wagiteekangaku omusita: ekyo niikyo kiweebwayo eky'obwita. 16Era kabona yayokyanga ekiijukiryo kyakyo, ekitundu ky'eŋanu yaakyo embetente, n'ekitundu ky'amafuta gaakyo, wamu n'omusita gwakyo gwonagwona:niikyo ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama.
1Era oba ng'awaayo sadaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; bw'eyawangayo ku nte, oba nume oba nkali, yawangayo ebulaku buleme mu maiso ga Mukama. 2Awo yateekanga engalo gye ku mutwe gwayo gy'awaayo, n'agiitira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni bakabona bamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi gyonagyona.3Era yawangayo ku saddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama; amasavu agabiika ku byenda n'amasavu gonagona agali ku byenda, 4n'amakoti gombiri, n'amasavu agagiriku, agaliraana enkeende, n'ekiserige ekiri ku ini, awamu n'ensigo, abitoolangaku. 5Awo abaana ba Alooni bagyookyeryanga ku kyoto ku kiweebwayo ekyokyebwa ekiri ku nku egiri ku musyo: niikyo kiweebwayo ekikolebwa n'omusyo, eky'eivumbe eisa eri Mukama.6Era oba ng'awaayo saddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama ku mbuli; oba nume oba nkali, yagiwangayo nga ebulaku buleme. 7Bw'eyawangayo omwana gw'entama okubba ekitone kye, yaguweerangayo mu maiso ga Mukama: 8awo yateekanga engalo gye ku mutwe gw'ekitone kye, n'agiitiranga mu maiso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni bamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi gyonagyona.9Era yawangayo ku saddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama; amasavu gaayo, omukira ogwe isava omulamba, yagusaliranga kumpi n'omugongo; n'amasavu agabika ku byenda, n'amasavu gonagona agali ku byenda, 10n'amakoti gombiri, n'amasavu agagiriku, agaliraana enkeende, n'ekisenge ekiri ku ini, awamu n'eikoti, yabitoolangaku. 11Awo kabona yagookyeranga ku kyoto: ekyokulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama.12Era oba ng'awaayo embuli, yagiweerangayo mu maiso ga Mukama: 13awo yateekanga engalo gye ku mutwe gwayo, n'agiitira mu maiso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni bamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi gyonagyona. 14Awo yawangayo ku iyo ekitone kye, ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama; amasavu agabiika ku byenda, n'amasavu gonagona agali ku byenda,15n'ensigo gyombiri, n'amasavu agagiriku, agaliraine enkende, n'ekisenge ekiri ku ini, awamu n'eikoti, yabitoolangaku. 16Awo kabona yabitumulanga ku kyoto: kye ky'okulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo olw'eivumbe eisa: amasavu gonagona ga Mukama. 17Lino lyabbanga eiteeka eritaijulukuka emirembe gyanyu gyonagyona mu nyumba gyanyu gyonagyona, obutalyanga ku masavu waire omusaayi.
1Mukama n'akoba Musa ng'atumula nti 2Buulira abaana ba Isiraeri ng'otumula nti Omuntu yenayena bw'eyayonoonanga nga tamanyiriire, mu kigambo kyonakyona ku ebyo Mukama bye yalagiire obutabikolanga, n'amala akola kyonakyona ku ebyo: 3kabona eyafukiibweku amafuta bwe yayonoonanga n'okuleeta n'aleetera abantu omusango; awo awengayo olw'ebibbiibi kye ky'ayonoonere ente enume envubuka ebulaku buleme eri Mukama okubba ekiweebwayo olw'ebibbiibi.4Awo yaleetanga ente eri omulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maiso ga Mukama; awo yateekanga engalo gye ku mutwe gw'ente, n'aitira ente mu maiso ga Mukama. 5Awo kabona eyafukiibweku amafuta yatoolanga ku musaayi gw'ente, n'aguleeta eri eweema ey'okusisinkanirangamu:6awo kabona yayinikanga engalo ye mu musaayi, n'amansira ku musaayi emirundi musanvu mu maiso ga Mukama, mu maiso g'eijiji ly'awatukuvu. 7Awo kabona yasiiganga ku musaayi ku maziga g'ekyoto eky'okwotereryangaku eby'akaloosa mu maiso ga Mukama, ekiri mu weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonagwona ogw'ente yaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwaku ebyokyebwa ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.8N'amasavu gonagona ag'ente ey'ekiweebwayo olw'ebibbiibi yagitoolangaku; amasavu agabiika ku byenda, n'amasavu gonagona agali ku byenda, 9n'ensigo gyombiri, n'amasavu agagiriku, agaliraana enkeende, n'ekisenge ekiri ku ini, awamu n'eikoti, yabitolangaku, 10nga bwe gatoolebwa ku nte eya sadaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe: awo kabona yabyokyeryanga ku kyoto ekiweerwaku ebyokebwa.11N'oluwu ly'ente, n'enyama yaayo yonayona, wamu n'omutwe gwayo, n'amagulu gaayo, n'ebyenda byayo, n'obusa bwayo, 12ente yonayona yagitwalanga ewanza w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu, ewuwe lifukibwe, agyokyenga n'omusyo ku nku: eikoke we lifukibwa eyo gy'eyayokyerwanga.13Era oba ng'ekibiina kyonakyona ekya Isiraeri kyasobyanga, ekigambo ne kigisibwa mu maiso g'ekibiina, era nga bakolere ekigambo kyonakyona ku ebyo Mukama bye yalagiire obutabikolanga, era nga bakolere omusango; 14ekibbiibi kye boonoonere bwe kyamanyibwanga, awo ekibiina kyabbangayo ente enume envubuka okubba ekiweebwayo olw'ebibbiibi, ne bagireetanga mu maiso g'eweema ey'okusisinkanirangamu. 15Awo abakaire b'ekibiina bateekanga engalo gyabwe ku mutwe gw'ente mu maaso ga Mukama: ne baitira ente mu maiso ga Mukama.16Awo kabona eyafukiibwrku amafuta yaleetanga ku musaayi gw'ente eri eweema ey'okusisinkanirangamu: 17awo kabona yainikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira emirundi musanvu mu maiso ga Mukama, mu maiso g'eijiji.18Awo yasiiganga ku musaayi ku maziga g'ekyoto ekiri mu maiso ga Mukama, ekiri mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'omusaayi gwonagwona yaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwaku ebyokyebwa, ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 19N'amasavu gaayo gonagona yagitoolangaku, n'agookyera ku kyoto.20Atyo bweyakolanga ente; nga bwe yakolere ente ey'ekiweebwayo olw'ebibbiibir, bw'atyo bw'anaakolanga eno: ne kabona anaabatangiriranga, bo ne basonyiyibwa. 21Awo anaatwalanga ente ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bwe yayokya ente ey'olubereberye: kye kiweebwayo olw'ekibi olw'ekibiina.22Omukulu yenna bw'ayonoonanga, n'akola nga tamanyiridde ekigambo kyonna kyonna ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira obutabikolanga, era ng'azzizza omusango; 23ekibi ky'ayonoonye bw'anaakitegeezebwanga, anaaleetanga embuzi okuba ekitone kye, ennume eteriiko bulema;24awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'embuzi, n'agittira mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama: kye kiweebwayo olw'ekibi. 25Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa.26N'amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto, ng'amasavu aga ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe: awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye, naye anaasoyiyibwanga.27Era oba ng'omuntu yenna ku bantu ab'omu nsi ayonoona nga tamanyiridde, ng'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era ng'azzizza omusango; 28ekibi kye ky'ayonoonye bw'anaakitegeezebwanga, awo anaaleetanga embuzi okuba ekitone kye, enkazi eteriiko bulema, olw'ekibi ky'ayonoonye.29Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'attira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'ekiweebwayo ekyokebwa. 30Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto.31N'amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng'amasavu bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaagookeranga ku kyoto okuba evvumbe eddungi eri Mukama; era kabona anaamutangiriranga, naye anaasonyiyibwanga.32Era oba ng'aleeta omwana gw'endiga okuguwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga enkazi eteriiko bulema. 33Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agitta okuba ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa.34Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'aguteeka ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto: 35n'amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng'amasavu g'omwana gw'endiga bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona annabyokeranga ku kyoto, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye, naye anaasonyiyibwanga.
1Era oba ng'omuntu yenayena ayonoona, ng'awulira eidoboozi ery'okulayirya, oba nga mujulizi, oba nga yaboine oba nga yamaite, bw'atakitumulenga, kale yabbangaku obubbiibi bwe: 2era oba ng'omuntu yenayena akoma ku kintu ekitali kirongoofu, oba mulambo gw'ensolo ey'omu nsiko eteri nongoofu, oba mulambo gw'ensolo ey'omu nyumba eteri nongoofu, oba mulambo gw'ebyewalula ebitali birongoofu, naye ng'egisiibwe; n'abba atali mulongoofu, kale ng'aliku omusango:3era oba ng'akoma ku butali bulongoofu bw'omuntu bwonabwona obumufuula atali mulongoofu, naye ng'agisiibwe; bweyakimanyanga, kale ng'aliku omusango: 4era oba ng'omuntu yenayena alayira mangu n'omunwa gwe okukola obubbiibi, oba okukola obusa ekintu kyonakyona omuntu ky'eyatumulanga amangu n'ekirayiro, naye ng'agisiibwe; bw'eyakimanyanga, kale ng'aliku omusango mu kimu ku bigambo ebyo:5awo olulituuka bw'eyabbangaku omusango mu kimu ku ebyo, kale yayatulanga ekigambo kye yayonoona: 6awo yaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama olw'ekibbiibi ky'ayononere, enkali ey'omu kisibo, omwana gw'entama oba mbuli, okuba ekiweebwayo olw'ekibbiibi: no kabona yamutangiriranga olw'ekibbiibi kye.7Era oba ng'ebintu bye bitono n'okuyinza n'atayinza omwana gwa ntama, kale yaleetanga eri Mukama okubba ekyo ky'awaayo olw'omusango olw'ekigambo ky'ayonoonere, bukamukuukulu bubiri, oba amayemba amatomato mabiri; akamu ke kiweebwayo kye kibibiibi, ak'okubiri ke kiweebwayo ekyokebwa. 8Awo yabuleetanga eri kabona, naye yasookanga okuwaayo ak'ekiweebwayo olw'ekibbiibi, n'anyoola omutwe gwako ku ikoti lyako, yeena n'atakasalamu: 9awo yamansiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'ekibbiibi ku mambali kw'ekyoto; n'omusaayi gwonagwona ogusigairewo gwatonnyezebwanga ku ntobo y'ekyoto: kye kiweebwayo olw'ekibbiibi.10Era yawangayo ak'okubiri okubba ekiweebwayo ekyokebwa, ng'ekiragiro bwe kiri: no kabona yamutangiriranga olw'ekibbiibi ky'ayonoonere, yeena yasonyiyibwanga.11ona yamutangiriranga olw'ekibbiibi ky'ayonoonere, yeena yasonyiyibwanga.11 Naye oba ng'ebintu bye bitono n'okuyinza n'atayinza bukaamukuukulu bubiri, waire amayeba amatomato amabiri, kale yaleetanga okubba ekitone kye olw'ekigambo ky'ayonoonere, ekitundu eky'eikumi ekya efa y'obwita obusa, okubba ekiweebwayo olw'ekibbiibi; tateekangaku mafuta, so tateekangaku musita: kubanga niikyo kiweebwayo olw'ekibbiibi.12Awo yabuleetanga eri kabona, kabona n'abutoolaku olubatu lwe okubba ekiijukiryo kyabwo, n'abwokyerya ku kyoto, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omusyo: niikyo ekiweebwayo olw'ekibbiibi. 13Ne kabona yamutangiriranga olw'ekibbiibi ky'ayonoonere mu bigambo ebyo byonabona, yeena yasonyiyibwanga: n'ekitundu ekyafiikangawo kyabbanga kya kabona, ng'ekiweebwayo eky'obwita.14Mukama n'akoba Musa nti 15Omuntu yenayena bw'asobyanga, n'ayonoona nga tamanyiriire mu bigambo ebitukuvu ebya Mukama; kale yaleetanga eri Mukama ekyo ky'awaayo olw'omusango, entama enume ebulaku buleme ey'omu kisibo, nga bw'ewasaliranga feeza mu sekeri, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, okubba ekiweebwayo, olw'omusango: 16era yagaitanga olw'ekigambo ky'asoberye mu kigambo ekitukuvu era yakyongerangaku ekitundu eky'eikumi, n'akiwa kabona: no kabona yamutangiriranga n'entama enume ey'ekiweebwayo olw'omusango, yena yasonyiyibwanga.17Era omuntu yenayena bw'eyayonoonanga, ng'akola ekigambo kyonakyona ku ebyo Mukama bye yalagiire obutabikolanga; waire nga yabbaire takimaite, naye ng'aliku omusango, era yaabbangaku obubiibi bwe. 18Awo yatoolanga entama enume ebilaku buleme ng'agitoola mu ntama gye, nga bw'ewasalanga, okubba ekiweebwayo olw'omusango n'agireeta eri kabona: no kabona yamutangiriranga olw'ekigambo kye yasoberye nga tamanyiriire n'atakitegeera, yeena yasonyiyibwanga. 19Niikyo ekiweebwayo olw'omusango: mazima ng'aliku omusango mu maiso ga Mukama.
1Mukama n'akoba Musa nti 2Omuntu yenayena bw'ayonoonanga, n'asobya ku Mukama, n'alyazaamaanya muliraanwa we mu bigambo eby'okugisisya, oba mu by'okulamulagana, oba mu by'okunyaga, oba bw'abbanga ajoogere muliraanwa we; 3oba bw'aba ng'azwire ekyazaawire, n'akiryazaamaanya, n'alayira eby'obubbeyi; mu kigambo kyonakyona ku ebyo byonabyona omuntu ky'akola ng'ayonoona atyo; 4kale olwatuukanga Bw'abba ng'ayonoonere era ng'aliku omusango, nairyangayo ekyo kye yanyagire, oba kye yafunire olw'okujooga, oba ekyatereseibwe kye bamukwatisirye, oba ekyazaawire kye yaizwiire5oba ekintu kyonakyona kye yalayiriire ng'abbeya; yakiryangayo kyonakyona, era akyongerangaku ekitundu kyakyo eky'okutaanu: mwene wakyo gw'alikiwa ku lunaku lw'aliboneka ng'aliku omusango. 6Era yaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama, entama enume ebulaku buleme ey'omu kisibo, nga bw'ewasalanga okubba ekiweebwayo olw'omusaago, eri kabona: 7no kabona yamutangiriranga mu maiso ga Mukama, naye yasonyiyibwanga; mu bigambo byonabyona bye yabbaire akolere ebimuleetaku omusango.8Mukama n'akoba Musa nti 9Lagira Alooni n'abaana be nti Lino niilyo eiteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa: ekiweebwayo ekyokebwa kyabbanga ku nku gyakyo ku kyoto, kyagonangaku okukyeesya obwire; era omusyo ogw'omu kyoto gwakumibwanga omwo obutazikiranga.10Era kabona yavaalanga ekivaalo kye ekya bafuta, no seruwale ye eya bafuta yagivaalanga ku mubiri gwe; kale yasitulanga eikoke eriviire mu kiweebwayo ekyokebwa omusyo kye gwokyerye ku kyoto, era yaliteekanga ku mbali kw'ekyoto. 11Awo yayambulanga ebivaalo bye, n'avaala ebivaalo ebindi, n'atwala eikoke ewanza w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu.12Era omusyo oguli ku kyoto gwakumibwanga omwo obutalikiranga; era kabona yayokyeryangaku enku buli makeeri: era yakiteekerateekerangaku ekiweebwayo ekyokyebwa, era yakyokyeryangaku amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe. 13Omusyo gwakumibwanga mu kyoto lutalekula; tegwalikiranga.14Era lino niilyo eitakali ery'ekiweebwayo eky'obwita: abaana ba Alooni bamakiwerangayo mu maiso ga Mukama mu maiso g'ekyoto. 15Era yakitoolangaku engalo engizuli, ku bwita obusa obw'ekiweebwayo eky'obwita, no ku mafuta gaakyo, n'omugavu gwonagwona oguli ku kiweebwayo eky'obwita, n'akyokyerya ku kyoto okubba eivumbe eisa, okuba ekijukiryo kyakyo eri Mukama.16N'ekyo ekyafikangawo Alooni n'abaana be bakiryanga: kyaliirwanga awabula kizimbulukusya mu kifo ekitukuvu; mu luya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu mwe bakiriiranga. 17Tekyokebwanga n'ekizimbulukusya. Nkibawaire okubba omugabo gwabwe ku byange ebiweebwayo ebikolebwa n'omusyo; niikyo ekitukuvu einu, ng'ekiweebwayo olw'ekibbiibi, era ng'ekiweebwayo olw'omusango. 18Buli musaiza ku baana ba Alooni bakiryangaku, okubba eibbanja enaku gyonagyona mu mirembe gyanyu gyonagyona, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omusyo; buli eyabikomangaku yabbanga mutukuvu.19Mukama n'akoba Musa nti 20Kino niikyo ekitone kya Alooni n'abaana be, kye bawangayo eri Mukama ku lunaku lw'alifukirwaku amafuta; ekitundu eky'eikumi ekya efa y'obwita obusa okubba ekiweebwayo eky'obwita enaku gyonagyona, ekitundu kyabwo amakeeri, n'ekitundu kyabwo eigulo.21Ku kikalangu kwe bwafumbirwanga n'amafuta; bwe bumalanga okunyikira, kaisi n'obuyingirya: wawangayo ekiweebwayo eky'obwita mu bitole ebyokye okubba eivumbe eisa eri Mukama. 22Era kabona eyafukiibweku amafuta yabbanga mu kifo kye ow'oku baana be iye yakiwangayo: kyayokyebwanga kyonakyona eri Mukama olw'eiteeka eritalikyuka enaku gyonagyona. 23Era buli ekiweebwayo eky'obwita ekya kabona kyayokyebwanga kyonakyona: tekiriibwanga.24Mukama n'akoba Musa nti 25Koba Alooni n'abaana be nti Lino niilyo eiteeka ery'ekiweebwayo olw'ekibbiibi: mu kifo ekiweebwayo ekyokebwa mwe kiitirwa n'ekiweebwayo olw'ekibbiibi mwe kyaitirwanga mu maiso ga Mukama:niikyo ekitukuvu einu. 26Kabona akiwaayo olw'ekibbiibi y'akiryanga: kyaliirwanga mu kifo ekitukuvu, mu luya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu.27Buli ekyakomanga ku nyama yakyo kyabbanga kitukuvu: era bwe kyamansirwanga ku musaayi gwakyo ku kivaalo kyonakyona, wayozeryanga ekyo ekimansiirweku mu kifo ekitukuvu. 28Naye ekintu ekibumbe mwe kifumbirwa kyayasibwanga: era oba nga kifumbiibwe mu kintu eky'ekikomo, kyasiimuulwanga era kyayozebwanga n'amaizi.29Buli musaiza ku bakabona yakiryangaku: niikyo ekitukuvu einu. 30So tewabbanga kiweebwayo lwe kibbiibi, kye batoolaku ku musaayi gwakyo ne baguyingirya mu weema ey'okusisinkanirangamu okutangirira mu watukuvu, kye balyaku; kyayokyebwanga n'omusyo.
1Era lino niilyo eiteeka ery'ekiweebwayo olw'omusango: niikyo kitukuvu einu. 2Mu kifo mwe baitiire ekiweebwayo ekyokyebwa mwe baitiranga ekiweebwayo olw'omusango: n'omusaayi gwakyo yagumansiranga ku kyoto enjuyi gyonagyona. 3Era yawangayo ku ikyo amasavu gaakyo gonagona; omukira ogwa sava, n'amasavu agali ku byenda 4n'ensigo gyombiri, n'amasavu agagiriku, agaliraana n'enkende, n'ekisenge ekiri ku ini, awamu n'ensigo, yabitoolangaku:5awo kabona yabyokyeryanga ku kyoto okubba ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama: niikyo kiweebwayo olw'omusango. 6Buli musaiza ku bakabona yakiryangaku: kyaliirwanga mu kifo ekitukuvu: niikyo ekitukuvu einu.7Ng'ekiweebwayo olw'ekibbiibi bwe kiri, n'ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri kiti: eiteeka lyabyo limu: kabona yakitangiriryanga Niiye yabbanga nakyo. 8Era kabona awaayo ekiweebwayo ekyokyebwa eky'omuntu yenayena, kabona oyo Niiye yetwaliranga okuwu olw'ekiweebwayo ekyokyebwa ky'awaireyo.9Era buli ekiweebwayo eky'obwita ekyokyerwa mu kabiga, ne byonabyona ebirongoosebwa mu kikalango, no ku kikalango eky'omu kabiga, byabbanga bya kabona abiwaayo. 10Era buli ekiweebwayo eky'obwita ekitabulwamu amafuta oba kikalu, abaana ba Alooni bonabona baabbanga nakyo, buli muntu okwekankana ne mwinaye.11Era lino niilyo eiteeka erya Sadaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe omuntu by'eyawangayo eri Mukama 12Oba ng'agiwaayo olw'okwebalya, kale yaweerangayo wa mu ne Sadaaka ey'okwebalya emigaati egitazimbulukuswa egitabwirwemu amafuta, n'egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigiibweku amafuta, n'emigaati egitabwirwemu amafuta, egy'obwita obusa obwiniikiibwe.13Awamu n'emigaati egizimbulukuswa bw'eyawangayo ky'awaayo wamu ne Sadaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe olw'okwebalya. 14Era ku iyo yawangayo gumu ku buli kitone okubba ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; gwabbanga gwa kabona oyo amansira omusaayi ogw'ebiweebwayo olw'emirembe.15Era enyama eya Sadaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe olw'okwebalya yaliibwanga ku lunaku lw'agiweeraku; tafisyangaku okutuusya Amakeeri. 16Naye oba nga Sadaaka gy'awaayo bweyamu, oba gy'awaayo ku bubwe, eneriibwanga ku lunaku lw'aweeraku sadaaka ye: n'amakeeri ekyafikangaku kyaliibwanga;17naye ekyafiikanga ku nyama eya sadaaka ku lunaku olw'okusatu kyayokyebwanga n'omusyo. 18Era oba ng'enyama yonayona eya sadaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe yalibwanga ku lunaku olw'okusatu, teikirizibwenga, so temwabalirwenga oyo agiwaayo: yabbanga yo muzizyo, n'omwoyo ogwagiryangaku gwabbangaku obubbiibi bwe.19Era enyama ekoma ku kintu kyonakyona ekitali kirongoofu teriibwanga; yayokyebwanga n'omusyo. N'enyama eyo, buli mulongoofu yagiryangaku: 20naye omwoyo ogwalyanga ku nyama eya Sadaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, Mukama niiye mwene wabyo, ng'aliku obutali bulongoofu bwe, omwoyo ogwo gwazikirizibwanga mu bantu be.21Era omuntu Yenayena bw'eyakomanga ku kintu ekitali kirongoofu, obutali bulongoofu bw'omuntu, oba ensolo eteri nongoofu, oba eky'omuzizyo kyonakyona ekitali kirongoofu, n'alya ku nyama eya Sadaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, Mukama niiye mwene wabyo, omwoyo ogwo gwazikirizibwanga mu bantu be.22Mukama n'akomba Musa nti 23Koba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku masavu, ag'ente, waire ag'entama, waire ag'embuli. 24N'amasavu g'eyo efa yonka n'amasavu g'eyo etaagulwa ensolo gaabbanga ge mirimu gindi gyonagyona: naye okulya temugalyangaku n'akatono,25Kubanga buli alya ku masavu g'ensolo, abantu gye bawaayo okubba ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama, omwoyo ogwo ogwagalyangaku gwazikirizibwanga mu bantu be. 26So temulyanga ku musaayi ogw'engeri yonayona, bwe gubba ogw'enyonyi waire ogw'ensolo, mu nyumba gyanyu gyonagyona. 27Buli muntu yenayena anaalyanga ku musaayi gwonagwona, omwoyo ogwo gwazikirizibwanga mu bantu be.28Mukama n'akoba Musa nti 29Koba abaana ba Isiraeri nti Awaayo Sadaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe eri Mukama yaleetanga ekitone kye eri Mukama Sadaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe: 30engalo gye mwene gyaleetanga ebiweebwayo ebya Mukama ebikoleibwe n'omusyo; amasavu n'ekifubba yabireetanga, ekifubba kiwuubibwewuubibwenga okubba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maiso ga Mukama.31Era kabona yayokyeryanga amasavu ku kyoto: naye ekifuba kyabbanga kya Alooni n'abaana be. 32N'ekisambi ekiryo mwakiwanga kabona okubba ekiweebwayo ekisitulibwa ku sadaaka gy'ebyo bye muwaayo olw'emirembe.33Oyo ku baana ba Alooni awaayo omusaayi gw'ebiweebwayo olw'emirembe, n'amasavu, niiye yabbanga n'ekisambi ekiryo okubba omugabo gwe. 34Kubanga ekifubba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa bye ntoire ku baana ba Isiraeri ku Sadaaka gy'ebyo bye bawaayo olw'emirembe, n'embiwa Alooni kabona n'abaana be, okubba eibbanja emirembe gyonagyona eri abaana ba Isiraeri.35Ogwo niigwo mugabo ogw'okufukibwaku amafuta ogwa Alooni, n'omugabo ogw'okufukibwaku amafuta ogw'abaana be, ogutoolebwa ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omusyo, ku lunaku lwe yabaleeteireku okuweererya Mukama mu bwakabona; 36Mukama gwe yalagiire okubawanga abaana ba Isiraeri; ku lunaku lwe yabafukiireku amafuta. Lyabbanga ibbanja enaku gyonagyona mu mirembe gyabwe gyonagyona.37Eryo niilyo iteeka ery'ekiweebwayo ekyokyebwa, ery'ekiweebwayo eky'obwita, n'ery'ekiweebwayo eky'ekibbiibi, n'ery'ekiweebwayo olw'omusango; n'ery'okwawula, n'erye Sadaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; 38Mukama lye yalagiire Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku kwe yalagiriire abaana ba Isiraeri okuwangayo ebitone byabwe eri Mukama mu idungu lya Sinaayi.
1Mukama n'akoba Musa nti 2Twala Alooni n'abaana be awamu naye, n'ebivaalo, n'amafuta ag'okufukaku, n'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibbiibi, n'entama enume gyombiri, n'ekiibo ekirimu emigaati egitazimbulukuswa; 3okuŋaanirye ekibiina kyonakyona ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.4Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagiire; ekibiina ne kikuŋaanyizibwa ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 5Musa n'akoba ekibiina nti Kino niikyo kigambo Mukama kye yalagiire okukola.6Musa n'aleeta Alooni n'abaaaa be, n'abanaabya n'amaizi. 7N'amuvaalisya ekizibawo, n'amusiba olukoba, n'amuvaalisya omunagiro, n'amuteekaku ekanzo, n'amusiba olukoba olw'ekanzo olwalukiibwe n'amagezi, n'aginywezya n'olwo.8N'amuteekaku eky'oku kifubba: ne mu ky'okukifubba yateekere Ulimu ne Sumimu. 9N'amutiikira enkoofiira ku mutwe; ne ku nkoofiira, mu maiso gaayo, n'ateekaku ekipande ekye zaabu, engule entukuvu; nga Mukama bwe yalagiire Musa.10Musa n'airira amafuta ag'okufukaku, n'agafuka ku weema ne ku byonabyona ebyagibbairemu, n'abitukulya. 11N'amansiraku ku kyoto emirundi musanvu, n'afuka ku kyoto n'ebintu byakyo byonabyona, n'eky'okunaabirangamu n'entobo yaakyo, okubitukulya.12N'afuka ku mafuta ag'okufukaku ku mutwe gwa Alooni, n'amufukaku amafuta, okumutukulya. 13Musa n'aleeta abaana ba Alooni, n'abavaalisya ebizibawo, n'abasiba enkoba, n'abasibaku ebiremba; nga Mukama bwe yalagiire Musa.14N'aleeta ente ey'ekiweebwayo olw'ekibbiibi: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo gyabwe ku mutwe gw'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibbiibi. 15N'agiita: Musa n'airira omusaayi, n'agusiiga ku maziga g'ekyoto enjuyi gyonagyna n'engalo ye, n'alongoosya ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, n'akitukulya, okukitangirira.16N'airira amasavu gonagona agaali ku byenda, n'ekisenge eky'oku ini, n'ensigo gyombiri, n'amasavu gagyo, Musa n'agookyerya ku kyoto. 17Naye ente N'oluwu lwayo n'enyama yaayo n'obusa bwayo n'abyokyerya n'omusyo ewanza w'olusiisira; nga Mukama bwe yalagiire Musa.18N'aleeta entama enume ey'ekiweebwayo ekyokyebwa: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo gyabwe ku mutwe gw'entama. 19N'agiita: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi gyogyona.20N'asala mu ntama ebitundu, byayo; Musa n'ayokya omutwe, n'ebitundu, n'amasavu. 21N'anaabya ebyenda n'amagulu n'amaizi Musa n'ayokyerya entama yonayona ku kyoto: yabbaire kiweebwayo ekyokyebwa olw'eivumbe eisa: yabbaire kiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama; nga Mukama bwe yalagiire Musa.22N'aleeta entama enume ey'okubiri, entama ey'okwawula: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo gyabwe ku mutwe gw'entama. 23N'agiita; Musa n'atoola ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku nsonda y'ekitu kya Alooni okiryo, no ku kinkumu ky'omukono gwe omulyo, no ku kigere ekisaiza eky'okugulu kwabwe okulyo, 24N'aleeta abaana ba Alooni, Musa n'asiiga ku musaayi ku nsonda y'ekitu kyabwe okiryo, ne ku kinkumu eky'omukono gwabwe omulyo, ne ku kigere ekisaiza eky'okugulu kwabwe okulyo: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi gyonagyona.25N'airira amasavu, n'omukira ogwa sava, n'amasavu gonagona agali ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo gyombiri, n'amasavu gagyo, n'ekisambi ekiryo: 26ne mu kiibo ekyabbairemu emigaati egitazimbulukuswa ekyali mu maiso ga Mukama n'atoolamu omugaati gumu ogutazimbulukuswa, n'omugaati gumu ogwasiigiibweku amafuta, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu, ne ku kisambi ekiryo: 27n'ateeka byonabyona mu ngalo gya Alooni no mu ngalo gyabaana be, n'abiwuubawuuba okubba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maiso ga Mukama.28Musa n'abitoola mu ngalo gyabwe, n'abyokyerya ku kyoto ku kiweebwayo ekyokyebwa: byabbaire bya kwawire olw'eivumbe eisa: byabbaire kiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama. 29Musa n'airira ekifuba, n'akiwuubawuuba okubba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maiso ga Mukama: gwabbaire mugabo gwa Musa ku ntama ey'okwawula; nga Mukama bwe yalagiire Musa.30Musa n'atoola ku mafuta ag'okufukaku, no ku musaayi ogwabbaire ku kyoto, n'agumansira ku Alooni, ku bivaalo bye, no ku baana be, no ku bivaalo by'abaana be awamu naye; n'atukulya Alooni, ebivaalo bye, n'abaana be, n'ebivaalo by'abaana be awamu naye.31Musa n'akoba Alooni n'abaana be nti Mufumbire enyama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: mugiriire eyo n'emigaati egiri mu kiibo eky'okwawula, nga bwe nalagiire nga ntumula nti Alooni n'abaana be babiryanga. 32Era ekyafikawo ku nyama no ku migaati mwakyokya n'omusyo. 33So temufulumanga mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu enaku musanvu, okutuusya enaku egy'okwawula kwanyu lwe girituukirira: kubanga alibaawulira enaku musanvu.34Nga bwe kikoleibwe watyanu, atyo Mukama bwe yalagiire okukola, okubatangirira. 35Era ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu gye mulimalira enaku musanvu emisana n'obwire, mwekuume ekiragiro kya Mukama muleke okufa: kubanga ntyo bwe nalagiirwe. 36Alooni n'abaana be ne bakola byonabyona Mukama bye yalagiire mu mukono gwa Musa.
1Awo olwatuukire ku lunaku olw'omunaana Musa n'ayeta Alooni n'abaana be n'abakaire ba Isiraeri; 2n'akoba Alooni nti Weetwalire enyana enume okubba ekiweebwayo olw'ekibbiibi, n'entama enume okubba ekiweebwayo ekyokyebwa, egibulaku buleme, ogiweereyo mu maiso ga Mukama.3Era abaana ba Isiraeri wabakoba nti mwetwalire embuli enume okubba ekiweebwayo olw'ekibbiibi; n'enyana n'omwana gw'entama, egyakamala omwaka ogumu gyombiri, egibulaku buleme, okubba ekiweebwayo ekyokyebwa; 4n'ente n'entama enume okubba ebiweebwayo olw'emirembe, okugiwaayo mu maiso ga Mukama; n'ekiweebwayo eky'obwita ekitabwirwemu amafuta: kubanga atyanu Mukama ayababonekera. 5Ne baleeta ebyo Musa by'alagiire mu maiso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: ekibiina kyonakyona ne kisembera ne kyemerera mu maiso ga Mukama.6Musa n'atumula nti Kino niikyo kigambo Mukama kye yalagiire mukikole: n'ekitiibwa kya Mukama kyabonekeire. 7Musa n'akoba Alooni nti Semberera ekyoto, oweeyo ekyo ky'owaayo olw'ekibbiibi n'ekyo ky'owaayo ekyokyebwa, weetangirire wekka n'abantu: oweeyo ekitone eky'abantu obatangirire; nga Mukama bwe yalagiire.8Awo Alooni n'asemberera ekyoto, n'aita enyana ey'ekiweebwayo olw'ekibbiibi, ekikye ku bubwe. 9Abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi: n'ainika engalo ye mu musaayi, n'agusiiga ku maziga g'ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto,10naye amasavu n'ensigo n'ekisenge eky'oku ini niikyo ekiweebwayo olw'ekibbiibi, n'abyokyerya ku kyoto; nga Mukama bwe yalagiire Musa. 11N'enyama n'oluwu n'ayokyerya n'omuliro ewanza w'olusiisira.12N'aita ekiweebwayo ekyokyebwa; abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi gyonagyona. 13Ne bamuleetera ekiweebwayo ekyokyebwa, ebitundu ebitundu kimu ku kimu, n'omutwe: n'abyokyerya ku kyoto. 14N'anaabya ebyenda n'amagulu, n'abyokyerya ku kiweebwayo ekyokyebwa ku kyoto.15N'aleeta ekitone eky'abantu, n'airira embuli ey'ekiweebwayo olw'ekibbiibi ekyabbaire ku bw'abantu, n'agiita, n'agiwaayo olw'ekibbiibi, nga n'eyoluberyeberye. 16N'aleeta ekiweebwayo ekyokyebwa, n'akiwaayo ng'ekiragiro bwe kyabbaire. 17N'aleeta ekiweebwayo eky'obwita, n'akitoolaku okiizulya olubatu lwe, n'agyokyerya ku kyoto, era n'ekiweebwayo ekyokyebwa eky'amakeeri.18Era n'aita ente n'entama enume, sadaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, eyabbaire ku bw'abantu: abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi gyonagyona, 19n'amasavu g'ente: no ku ntama omukira ogwa sava, n'agabiika ku byenda, n'ensigo n'ekisenge eky'oku ini:20amasavu ne bagateeka ku bifubba n'ayokyerya amasavu ku kyoto: 21n'ebifubba n'ekisambi ekiryo Alooni n'abiwuubawuuba okubba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maiso ga Mukama; nga Musa bw'alagiire.22Awo Alooni n'ayimusya emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa; n'aserengeta ng'amalire okuwaayo ekiweebwayo olw'ekibbiibi n'ekiweebwayo ekyokyebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe. 23Awo Musa na Alooni ne bayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, ne bafuluma, ne basabira abantu omukisa: awo ekitiibwa kya Mukama ne babonekera abantu bonabona. 24Omusyo ne guva eri Mukama mu maiso ge, ne gwokyerya ku kyoto ekiweebwayo ekyokyebwa n'amasavu: awo abantu bonabona bwe baaguboine ne batumulira waigulu ne bavuunama amaiso gaabwe.
1Awo Nadabu no Abiku, abaana ba Alooni ne bairira ebyotereryo buli muntu ekikye, n'ateeka omwo omusyo, n'ateekaku eby'okwoterya, n'awaayo omusyo ogundi mu maiso ga Mukama, gw'atalagiranga. 2Omusyo ne guva eri Mukama mu maiso ge, ne gubookya, ne bafiira mu maiso ga Mukama.3Awo Musa kaisi n'akoba Alooni nti Kino niikyo ekyo Mukama kye yatumwire nti Natukulizibwanga mu abo abansemberera, era mu maiso g'abantu bonabona nagulumizibwanga. Alooni ne yeesirikira. 4Musa n'ayeta Misaeri no Erizafani, abaana ba Wuziyeeri kweiza wa Alooni, n'abakoba nti Musembere, musitule bagande banyu okubatoola mu maiso g'awatukuvu mubatwale ewanza w'olusiisira.5Awo ne basembera, ne babasitula nga bavaire ebizibawo byabwe ne babatwala ewanza w'olusiisira; nga Musa bw'atumwire. 6Musa n'akoba Alooni ne Eriyazaali no Isamaali, bataane be, nti Temusumulula nziiri gyo ku mitwe gyanyu, so temukanula bivaalo byanyu; muleke okufa, era aleke okusunguwalira ekibiina kyonakyona: naye bagande banyu, enyumba ya Isiraeri yonayona, bakungire okwokya Mukama kw'ayokyerye. 7So temufuluma mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, muleke okufa: kubanga amafuta ga Mukama ag'okufukaku gali ku imwe. Ne bakola ng'ekigambo kya Musa bwe kyabbaire.8Mukama n'akoba Alooni nti 9Tonywanga ku mwenge waire ekitamiirya, iwe waire abaana bo awamu naiwe, bwe mwayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, muleke okufa: lyabbanga iteeka eritakyuka mu mirembe gyanyu gyonagyona 10era kaisi mwawulengamu ebitukuvu n'ebitali bitukuvu, n'ebirongoofu n'ebitali birongoofu; 11era kaisi mwegeresye abaana ba Isiraeri amateeka gonagona Mukama ge yababuuliire mu mukono gwa Musa.12Musa n'akoba Alooni ne Eriyazaali no Isamaali abaana be abasigairewo nti Mutwale ekiweebwayo eky'obwita ekisigairewo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omusyo, mugiriire awabula kizimbulukusya ku mbali kw'ekyoto: kubanga niikyo kitukuvu einu: 13era mwagiriira mu kifo ekirukuvu, kubanga niilyo eibbanja lyo, era ibbanja lya baana bo, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omusyo: kubanga ntyo bwe nalagiirwe.14N'ekifubba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa mwabiriira mu kifo ekirongoofu; iwe na bataane bo na bawala bo awamu naiwe: kubanga biweebwa gy'oli okubba eibbanja lyo, era eibbanja ly'abaana bo, ku sadaaka gy'ebyo abaana ba Isiraeri bye bawaayo olw'emirembe. 15Ekisambi ekisitulibwa n'ekifubba ekiwuubibwawuubibwa babireeteranga wamu n'ebiweebwayo ebikolebwa n'omusyo eby'amasavu, okubiwuubawuuba okubba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maiso ga Mukama: era byabbanga bibyo, era bya baana bo awamu naiwe, okubba eibbanja emirembe gyonagyona; nga Mukama bwe yalagiire.16Musa n'asaagirira dala embuli ey'ekiweebwayo olw'ekibbiibi, era, bona, ng'eyokyeibwe: n'asunguwalira Eriyazaali no Isamaali abaana ba Alooni abaasigairewo ng'atumula nti 17Ekibalobeire okuliira ekiweebwayo olw'ekibbiibi mu kifo eky'awatukuvu kiki, kubanga kitukuvu inu, era yakibawaire okusitula Obubbiibi bw'ekibiina, okubatangirira mu maiso ga Mukama? 18Bona, omusaayi gwakyo teguleeteibwe mu watukuvu munda; temwandiremere kugiriira mu watukuvu, nga bwe ndagiire.19Awo Alooni n'akoba Musa nti Bona, atyanu bawaireyo ekyo kye bawaayo olw'ekibbiibi n'ekyo kye bawaayo ekyokyebwa mu maiso ga Mukama; era bimbaireku ebigambo ebyenkaniire wano: era singa ndiire ekiweebwayo olw'ekibbiibi watyanu, kyandibaire kisa inu mu maiso ga Mukama? 20Kale Musa bwe yawuliure, n'ekibba kisa inu mu maiso ge.
1Mukama n'atumula no Musa no Alooni ng'abakomba nti 2Mukobe abaana ba Isiraeri nti Bino niibyo ebiramu bye mwalyanga ku nsolo gyonagyona eziri ku nsi.3Buli ekyawulamu ekinuulo, era ekirina ekigere ekyaseemu, era ekiirya obwenkulumu, mu nsolo, ekyo niikyo kyemwalyanga. 4Naye bino niibyo mutalyanga ku ebyo ebiirya obwenkulumu oba ku ebyo ebyawulamu ekinuulo: eŋamira, kubanga eirya obwenkulumu naye teyawulamu kinuulo, eyo ti nnongoofu gye muli.5N'omusu kubanga gwirya obwenkulumu naye tegwawulamu kinuulo, ogwo si mulongoofu gye muli. 6N'akamyu, kubanga kairya obwenkulumu naye tekaawulamu kinuulo, ako ti kalongoofu gye muli. 7N'embizzi kubanga eyawulamu ekinuulo era erina ekigere ekyaseemu, naye teirya bwenkulumu, eyo si nongoofu gye muli. 8Ku nyama yagyo temulyangaku, so n'emirambo gyagyo temugikomangaku; ti nongoofu gye muli.9Bino bye mwalyanga ku byonabyona ebiri mu maizi: buli ekirina amawa n'amagalagamba mu maizi, mu nyanza no mu miiga, ebyo bye mwalyanga. 10Era buli ekibula mawa na magalagamba mu nyanza ne mu miiga, ku byonabyona ebitambulira mu maizi no ku biramu byonabyona ebiri mu maizi, byo muzizo gye muli,11era byabbanga byo muzizo gye muli; temulyanga ku nyama yaabyo, n'emirambo gyabyo mwagyetanga gyo muzizo. 12Buli ekibula mawa waire amagalagamba mu maizi, ekyo kyo muzizo gye muli.13Ne bino niibyo bye mwayetanga eby'omuzizo ku nyonyi; tebiriibwanga, byo muzizo: ennunda, n'eikokooma, ne makwanzi; 14ne ikoli, n'eiriirawamu n'engeri yaalyo; 15buli waikova n'engeri yaabo; 16ne maaya, n'olubugabuga, n'olusove, n'enkambo n'engeri yaayo;17n'ekiwuugulu, n'enkobyokoobyo, n'ekufufu; 18n'ekiwuugulu eky'amatu, ne ibbusi (Endere) n'ensega; 19ne kasida, ne mpaabaana n'engeri ye, n'ekkookootezi, n'ekinyira.20Ebyewalula byonabyona ebirina ebiwawa ebitambulya amagulu ana byo muzizo gye muli. 21Naye bino bye musobola okulya ku byonabyona ebyewalula ebirina ebiwawa ebitambulya amagulu ana, ebirina amagulu waigulu ku bigere byabyo, okugabuusya ku nsi; 22bino bye musobola okulya ku ebyo enzige n'engeri yaayo, n'enseenene n'engeri yaayo, n'akanyeenyenkule n'engeri yaako, n'eideede n'engeri yaalyo. 23Naye ebyewalula byonabyona ebirina ebiwawa, ebirina amagulu ana, byomuzizo gye muli.24Ne bino niibyo byabafuulanga abatali balongoofu: buli eyakomanga ku mulambo gwabyo yabbanga atali mulongoofu okutuusya olweigulo 25era buli asitula ku mulambo gwabyo yayozyanga engoye gye, era yabbanga atali mulongoofu okutuusya olweigulo.26Buli nsolo eyawulamu ekinuulo, so nga ebula kigere kyaseemu, so teirya bwenkulumu, ti noongoofu gye muli: buli ekyagikomangaku yabbanga atali mulongoofu. 27Era buli etambulya ebibatu byayo ku nsolo gy'onagyona egitambulya amagulu ana, egyo ti nongoofu gye muli: buli eyakomanga ku mulambo gwagyo yabbanga atali mulongoofu okutuusya olweigulo. 28Era oyo asitula omulambo gwagyo yayozanga engoye gye, era yabbanga atali mulongoofu okutuusya olweigulo: egyo ti nongoofu gye muli.29Ne bino niibyo bitali birongoofu gye muli ku byewalula ebyewalula ku nsi; eigunju, n'emese, n'ekkonkomi enene n'engeri yaalyo, 30ne anaka, n'engaiza, n'omukyoolo, n'ekkonkomi, ne nkuniavu.31Ebyo niibyo ebitali birongoofu gye muli ku ebyo byonabyona ebyewalula: buli eyabikomangaku, nga bifiire, yabbanga atali mulongoofu okutuusya olweigulo. 32Era ekintu kyonakyona ekyatoolebwangaku kyonna kyonna ku byo, nga bifiire, kyabbanga ekitali kirongoofu; bwe kibbanga ekintu kyonakyona eky'omusaale, oba kivaalo, oba luwu, oba nsawo, oba kintu kyonakyona, ekikolya omulimu gwonagwona, kikigwaniranga okuteekebwa mu maizi, era kyabbanga ekitali kirongoofu okutuusya olweigulo; Kaisi ne kibba ekirongoofu. 33Na buli kintu eky'eibbumba, ekyagwibwangamu kyonakyona ku ebyo, ekibbanga mu ikyo kyonakyona kyabbanga ekitali kirongoofu, kyona mwakyasanga.34Eky'okulya kyonakyona ekirimu ekiriika, ekisobola okufukibwaku amaizi, kyabbanga ekitali kirongoofu: na buli kyo kunywa ekyaywibwanga mu buli kintu (ekiri kityo) kyabanga ekitali kirongoofu. 35Era buli kintu ekyagwibwangaku ekitundu kyonakyona eky'omulambo gwabyo kyabbanga ekitali kirongoofu; oba kabiga, oba amaiga g'entamu, kyamenyebwamenyebwanga: ti birongoofu, era byabbanga ebitali birongoofu gye muli.36Naye ensulo oba obwina omuli amaizi agakuŋaanyizibwa kyabbanga ekirongoofu: naye ekyakomanga ku mulambo gwabyo kyabbanga ekitali kirongoofu. 37Era oba nga ku mulambo gwabyo kugwa ku nsigo yonayona ey'okusiga eyaba okusigibwa, iyo yabbanga nongoofu. 38Naye oba ng'amaizi gafukibwa ku nsigo, ne ku mulambo gwabyo no kugwa okwo, nga ti nongoofu gye muli.39Era oba ng'ensolo yonayona, gye musobola okulyaku, efa; akoma ku mulambo gwayo yabbanga atali mulongoofu okutuusya olweigulo. 40N'oyo eyalyanga ku mulambo gwayo yayozanga engoye gye era yabbanga atali mulongoofu okutuusya akawungeezi: era n'oyo eyasitulanga omulambo gwayo yayozanga engoye gye era yabbanga atali mulongoofu okutuusya olweigulo.41Na buli ekyewalula ekyewalula ku nsi kyo muzizo; tekiriibwanga. 42Buli ekitambulya ekida, na buli ekitambulya amagulu ana, oba buli ekirina amagulu amangi, buli ebyewalula ku nsi, ebyo temubiryanga; kubanga byo muzizo.43Temwegwagwawalyanga na kyewalula kyonakyona, so temwefuulanga nabo abatali balongoofu, mubbe n'empitambibbi mutyo. 44Kubanga nze Mukama Katonda wanyu: kale mwetukulyenga, mubbenga abatukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu: so temwereeteranga mpitambibbi olw'engeri yonayona ey'ekyewalula ekitambula ku nsi. 45Kubanga nze ndi Mukama eyabaniinisirye okuva mu nsi y'e Misiri, okubba Katonda wanyu, kale imwe mwabbanga abatukuvu: kubanga nze ndi mutukuvu.46Eryo niilyo eiteeka ery'ensolo n'ery'enyonyi n'erya buli kitonde ekiramu ekitambula mu maizi, n'erya buli kitonde ekyewalula ku nsi: 47okwawulamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, n'ekiramu ekiriika n'ekiramu ekitaliika.
1Mukama n'akoba Musa nti 2Koba abaana ba Isiraeri nti Omukali bw'eyabbanga ekida n'azaala omwana ow'obwisuka, kale omukali oyo yabbanga atali mulongoofu enaku musanvu; nga bw'abba mu naku egy'okweyawula kw'endwaire ye, atyo bw'eyabbanga atali mulongoofu. 3Awo ku lunaku olw'omunaana omubiri gw'ekikuta kye gwakomolwanga.4Era omukali yamalanga enaku asatu na isatu mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe; takomanga ku kintu ekitukuvu, so tayingiranga mu kifo ekitukuvu, okutuusya enaku ez'okutukuzibwa kwe lwe giriwa. 5Yeena bw'eyazaalanga omwana ow'obuwala, kale yabbanga atali mulongoofu sabbiiti ibbiri, nga bw'abba mu kweyawula kwe; era yamalanga enaku nkaaga mu mukaaga mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe.6Awo enaku egy'okutukuzibwa kwe bwe giriwanga; egy'ow'obwisuka, oba gyo w'obuwala, yaleetanga omwana gw'entama ogw'omwaka ogw'oluberyeberye okubba ekiweebwayo ekyokyebwa, n'eiyemba eitoito, oba kamukuukulu, okubba ekiweebwayo olw'ekibbiibi, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona:7kale yatolebwangayo mu maiso ga Mukama, n'amutangirira; kale yalongoosebwanga mu nsulo y'omusaayi gwe. Eryo niiryo eiteeka ly'omukali azaala, oba wo bulenzi oba wo buwala. 8Era mu bintu bye bw'ataasobolenga kuleeta mwana gwe ntama, kale yatwalanga bakaamukuukulu babiri, oba amayemba amatomato mabiri; erimu okubba ekiweebwayo ekyokyebwa, n'erindi okubba ekiweebwayo olw'ekibbiibi: era kabona yamutangiriranga era yabbanga mulongoofu.
1Era Mukama n'akoba Musa no Alooni nti 2Omuntu bw'eyabbanga n'ekizimba oba kikuta oba mbalabe erungwire ku iddiba ly'omubiri gwe, ne kifuuka endwaire y'ebigenge ku iddiba ly'omubiri gwe, kale yaleetebwanga eri Alooni kabona, oba eri omumu ku baana be bakabona:3kale kabona yakeberanga endwaire eri ku iddiba ly'omubiri: era obwoya obuli awali endwaire bwe bubba nga bufuukire obweru, n'ekifaananyi ky'endwaire nga kifulumire wansi w'eiddiba ly'omubiri gwe, nga niiyo ndwaire y'ebigenge: awo kabona yamukeberanga, n'amwatulira nga ti mulongoofu. 4Era embalabe erungwire bw'ebbanga njeru ku iddiba ly'omubiri gwe, n'ekifaananyi kyayo nga tekifulumire wansi w'eiddiba, n'obwoya bwawo nga tebufuukire bweru, kale kabona yasibiranga ow'endwaire enaku musanvu:5awo kabona alimukebera ku lunaku olw'omusanvu: kale, bona, bw'eyabonanga ng'endwaire ekomere awo; n'endwaire nga tebunire ku iddiba, awo kabona yamusibiranga enaku musanvu egindi: 6awo kabona alimukebera ate ku lunaku olw'omusanvu: kale, bona, endwaire bw'ebba nga tekaali eboneka inu, n'endwaire nga tebunire ku iddiba, kale kabona yamwatuliranga nga mulongoofu: nga niikyo kikuta: kale yayozanga engoye gye, n'abba mulongoofu7Naye ekikuta bwe kyabunanga ku iddiba, ng'amalire okweraga eri kabona olw'okulongoosebwa kwe, yeraganga ate eri kabona: 8kale kabona yakeberanga, era, bona, ekikuta bwe kyabbanga kibunire ku iddiba, awo kabona yamwatuliranga nga ti mulongoofu: nga niibyo bigenge.9Endwaire y'ebigenge bw'ebbanga ekwite omuntu, awo yaleetebwanga eri kabona; 10kabona n'akebera, kale, bona, ekizimba ekyeru bwe kyabbanga ku iddiba, era nga kifiire obwoya okubba obweru, era enyama enjere enamu ng'eri awali ekizimba, 11nga niibyo bigenge eby'eira ku iddiba ly'omubiri gwe, era kabona yamwatuliranga nga ti mulongoofu: tamusibanga; kubanga oyo ti mulongoofu.12Era ebigenge bwe bifuutuukanga ku iddiba, ebigenge ne bibuna eiddiba lyonalyona ery'omulwaire okuva ku mutwe okutuusya ku bigere, okubona kwonakwona kabona kw'eyabonanga; 13kale kabona yakeberanga: awo, bona, ebigenge bwe byabbanga bibunire omubiri gwe gwonagwona, yamwatuliranga omulwaire nga mulongoofu: byonabyona bifuukire okubba ebyeru: oyo mulongoofu. 14Naye enyama enjere bw'eyabonekanga ku iye, yabbanga atali mulongoofu.15Awo kabona yakeberanga enyama enjere, n'amwatulira nga ti mulongoofu: enyama enjere ti nongoofu: niibyo bigenge. 16Oba enyama enjere bw'ekyukanga ate n'efuuka okubba enjeru, kale yaizanga eri kabona, 17kabona n'amukebera: era, bona, endwaire bw'ebbanga efuukire okubba enjeru, kale kabona yamwatuliranga omulwaire nga mulongoofu: oyo mulongoofu.18Era omubiri bwe gwabbangaku eiyute ku iddiba lyagwo, lyona nga lyawona, 19n'awaali eiyute ne wabbaawo ekizimba ekyeru, oba mbalabe erungwire, eryeruyeru era emyofumyofu, kale kylagibwanga kabona; 20awo kabona yakeberanga, era, bona, ekifaananyi kyakyo bwe kyabbanga nga kifulumire wansi w'eiddiba, n'obwoya bwawo nga bufuukire okubba obweru, kale kabona yamwatuliranga nga ti mulongoofu: niiyo ndwaire y'ebigenge, efulumire mu iyute.21Naye kabona bweyakikeberanga, era, bona, nga mubula bwoya bweru, so nga tekifulumire wansi w'eiddiba, naye nga tekiboneka kusa, awo kabona yamusibiranga enaku musanvu: 22awo bwe kyabunanga ku iddiba, awo kabona yamwatuliranga nga ti mulongoofu: eyo niiyo ndwaire: 23Naye embalabe erungwire bw'eyakomanga awo, era nga tebunire, eyo nga niiyo enkovu ey'eiyute; awo kabona yamwatuliranga nga mulongoofu.24Oba omubiri bwe gwabbangaku okwokyebwa n'omusyo ku iddiba lyagwo, enyama enamu eyokyeibwe n'efuuka okubba embalabe erungwire, enjeruyeru era emyofumyfu, oba njeru; 25awo kabona yagikeberanga: era, bona, obwoya obw'omu mbalabe erungwire bwe bwabbanga bufuukire okubba obweru, n'ekifaananyi kyayo nga kifulumire wansi w'eiddiba; bino niibyo ebigenge, byafulumire awayokyeibwe: kale kabona yamwatuliranga nga ti mulongoofu: nga niiyo endwaire y'ebigenge.26Naye kabona bw'eyagikeberanga, era, bona, nga wabula bwoya obweru awali embalabe erungwire, so nga tefulumire wansi w'eiddiba, naye nga teboneka kusa; kale kabona yamusibiranga enaku musanvu: 27kale kabona alimukebera ku lunaku olw'omusaavu: bw'eyabunanga ku iddiba, kale kabona yamwatuliranga nga ti mulongoofu: nga niiyo ndwaire y'ebigenge. 28Era embalabe erungwire bw'eyakomanga awo, nga tebunire ku iddiba, era nga teboneka kusa; nga niikyo kizimba eky'okwokyebwa, era kabona yamwatuliranga nga mulongoofu: kubanga eyo niiyo enkovu ey'okwokyebwa.29Era omusaiza oba mukali bweyabbanga n'endwaire ku mutwe oba ku kirevu, 30kale kabona yakeberanga endwaire: awo, bona, ekifaananyi kyayo bwe kyabbanga nga kifulumire wansi w'eiddiba, era nga mulimu enziiri egye kyenvu egy'entalaaga, kale kabona yamwatuliranga nga ti mulongoofu: ekyo niikyo kikakampa, niibyo ebigenge eby'oku mutwe oba eby'oku kirevu.31Era kabona bweyakeberanga endwaire ey'ekikakampa, era, bona, ekifaananyi kyayo nga tekifulumire wansi w'eiddiba, so nga wabula nziiri ngirugavu, kale kabona yamusibiranga omulwaire w'ekikakampa enaku musanvu:32awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera endwaire: era bona, ekikakampa bwe kyabbanga nga tekibunire, so nga wabula nziiri gye kyenvu, n'ekifaananyi ky'ekikakampa nga tekifulumire wansi w'eiddiba, 33kale yamwebwanga, naye ekikakampa takimwanga; era kabona yasibiranga omulwadde w'ekikakampa enaku musanvu egindi:34awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera ekikakampa: kale, bona, ekikakampa bwe kyabbanga nga tekibunire ku iddiba, n'ekifaananyi kyakyo nga tekifulumire wansi w'eiddiba; awo kabona yamwatuliranga nga mulongoofu: kale yayozanga engoye gye, n'aba mulongoofu.35Naye ekikakampa bwe kyabunanga ku iddiba ng'amalir okulongoosebwa; 36awo kabona yamukeberanga: era, bona, ekikakampa bwe kyabbanga kibunire ku iddiba, kabona tasagiranga nziiri gye kyenvu; oyo ti mulongoofu. 37Naye bweyalabbanga ng'ekikakampa kikomere awo, n'ezviiri engirugavu nga gimererewo; ekikakampa nga kiwonere, oyo mulongoofu: kale kabona yamwatuliranga nga mulongoofu.38Era omusaiza oba mukali bw'eyabbanga n'embalabe egirungwire ku iddiba ly'omubiri gwabwe, niigyo mbalabe egirungwire enjeru; 39kale kabona yakeberanga: awo, bona, embalabe egirungwire egiri ku iddiba ly'omubiri gwabwe bwe gyabbanga enjeruyeru; nga niibwo butulututtu, nga bufulumire mu iddiba; oyo mulongoofu.40Era omusaiza bw'eyabbanga akuunyukire enziiri egy'oku mutwe gwe, oyo nga we mpaata; (yena) mulongoofu. 41Era bweyabbanga akuunyuukire enziiri egy'omu kawumpo, nga we mpaata kyo mu kawumpo; yena nga mulongoofu.42Naye endwaire enjeruyeru era emmyofumyofu bw'eyabbanga ku mutwe ogw'empaata oba mu kawumpo ak'empaata; ebyo niibyo bigenge ebifuluma mu mutwe gwe ogw'empaata oba mu kawumpo ke ak'empaata. 43Awo kabona yamukeberanga: kale, bona, ekizimba eky'endwaire bwe kyabbanga ekyeruyeru era ekimyofumyofu ku mutwe gwe ogw'empaata, oba mu kawumpo ke ak'empaata, ng'ekifaananyi ky'ebigenge bwe kiri ku iddiba ly'omubiri; 44oyo nga we bigenge, ti mulongoofu: kabona talemanga kumwatulira nga ti mulongoofu; endwaire ng'eri ku mutwe gwe.45Era omugenge alina endwaire, engoye gye gyabbanga nkanulekanule, n'enziiri ez'oku mutwe gwe tagisibangaku, era yabiikanga ku mumwa gwe ogwa waigulu, era yatumuliranga waigulu nti tindi mulongoofu, tindi mulongoofu. 46Enaku gyonagyona endwaire ng'ekaali ku iye yabbanga atali mulongoofu; ti mulongoofu: yabbanga yenka; enyumba ye yabbanga wanza wo lusiisira.47Era n'ekivaalo ekiriku endwaire y'ebigenge, oba kivaalo kye byoya bye ntama oba kivaalo kye bafuta; 48bwe bibbanga ku wuuzi egy'obusimba oba ku gy'obukiika; oba kye bafuta oba kye byoya; bwe bibbanga ku iddiba oba ku kintu ekikoleibwe n'eiddiba; 49endwaire bw'eyabbanga eya nawandagala oba emmyofumyofu ku kivaalo, oba ku iddiba, oba ku wuuzi egy'obusimba, oba ku gy'obukiika, oba ku kintu kyonakyona eky'eiddiba; eyo nga ndwaire ye bigenge, era yalagibwanga kabona:50awo kabona yagisanga endwaire, n'asibira ekiriku endwaire enaku musanvu: 51kale alikebera endwaire ku lunaku olw'omusanvu: endwaire bw'eyabbanga ebunire ku kivaalo, oba ku wuuzi egy'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku iddiba, omulimu gwonagwona eiddiba gwe likola; endwaire nga bigenge ebirya; nga ti kirongoofu. 52Awo yayokyanga ekivaalo, oba wuuzi gyo busimba, oba gyo bukiika, oba ng'eri mu byoya oba mu bafuta, oba mu kintu kyonakyona eky'eiddiba, omuli endwaire: kubanga ebyo niibyo bigenge ebirya; kyayokyebwanga mu musyo.53Era kabona bw'eyakeberanga, kale, bona, endwaire nga tebunire mu kivaalo, waire mu wuuzi ez'obusimba, waire mu gy'obukiika, waire mu kintu kyonakyona eky'eiddiba; 54kale kabona yalagiranga booze ekintu ekirimu endwaire, n'akisibira enaku musanvu egindi: 55awo kabona yakeberanga, endwaire ng'emalire okwozebwa: kale, bona, endwaire bw'eyabbanga tekyusirye ibala lyayo, era endwaire nga tebunire, ekyo nga ti kirongoofu; wakyokyanga mu musyo: eyo niiyo ndwaire erya, okukuubuuka bwe kwabbanga munda oba kungulu.56Era kabona bweyakeberanga, era, bona, endwaire nga teboneka kusa ng'emalire okwozebwa, kale yagikanulanga okugitoola mu kivaalo oba mu iddiba, oba mu wuuzi egy'obusimba, oba mu gy'obukiika: 57era bw'eyabbanga ekaali eboneka mu kivaalo, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu gy'obukiika, oba mu kintu kyonakyona eky'eiddiba, ng'efuutuuka: wayokyanga n'omusyo ekyo ekirimu endwaire. 58N'ekivaalo oba wuuzi egy'obusimba, oba ez'obukiika, oba kintu kyonakyona eky'eiddiba nga bwe kyabbanga, kyewayozanga, endwaire bweyabbanga ebiviiremu, kale Kaisi ne kyozebwanga omulundi ogw'okubiri, ne kibba kirongoofu.59Eryo lyo eiteeka ery'endwaire y'ebigenge mu kivaalo eky'ebyoya oba mu kya bafuta, oba mu wuuzi egy'obusimba, oba mu gy'obuliika, oba mu kintu kyonakyona eky'eiddiba, okukyatuliranga nga kirongoofu, oba okukyatuliranga nga ti kirongoofu.
1Mukama n'akoba Musa nti 2Lino niilyo lyabbanga eiteeka ly'omugenge ku lunaku olw'okulongoosebwa kwe: yaleetebwanga eri kabona:3awo kabona yafulumanga mu lusiisira; kabona n'akebera, kale, bona, endwaire y'ebigenge bweyabbanga ewonere ku mugenge; 4kale kabona yalagiranga okutwalira oyo ayaba okulongoosebwa enyonyi ibiri enongoofu enamu, n'omusaale omwereli, n'olugoye olumyofu, n'ezobu: 5awo kabona yalagiranga okwitaku eimu ku nyonyi mu kintu ky'eibbumba ku maizi agakulukuta:6n'enyonyi enamu yagiiririranga n'omusaale omwerezi n'olugoye olumyofu n'ezobu, n'ainika ebyo n'enyonyi enamu mu musaayi gw'enyonyi eitiibwe ku maizi agakulukuta: 7awo yamansiranga ku oyo ayaba okulongoosebwaku ebigenge emirundi musanvu, n'amwatulira nga mulongoofu, n'alekulira enyonyi enamu mu itale mu ibbanga.8N'oyo ayaba okulongoosebwa yayozanga engoye gye, n'amwa enziiri gye gyonagyona, n'abona mu maizi, kale yabbanga mulongoofu: oluvanyuma kaisi n'ayingira mu lusiisira, naye yamalanga enaku musanvu ng'ali wanza w'eweema ye. 9Awo olwatuukanga ku lunaku olw'omusanvu, yamwanga enziiri gye gyonagyona okugitoola ku mutwe gwe n'ebirevu bye n'ebisige bye, enziiri gye gyonagyona yagimwanga: era yayozanga engoye gye, n'anaaba omubiri gwe mu maizi, kale yabbanga mulongoofu.10Awo ku lunaku olw'omunaana anairiranga abaana b'entama abalume babiri ababulaku buleme, n'omwana gw'entama omuluusi ogumu ogwakamala omwaka ogumu ogubulaku buleme, n'ebitundu bisatu eby'eikumi eby'obwita obusa okubba ekiweebwayo eky'obwita, obutabwirwemu amafuta, n'ekibya kimu eky'amafuta. 11No kabona amulongoosya yateekanga omuntu ayaba okulongoosebwa n'ebintu ebyo mu maiso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu:12awo kabona yairirangaku gumu ku baana b'entama omulume, n'aguwaayo okubba ekiweebwayo olw'omusango n’ekibya eky’amafuta, n’abiwuuba okubba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maiso ga Mukama. 13yaitirwanga omwana gw'endiga omulume mu kifo mwe baitira ekiweebwayo olw'ekibbiibi n'ekiweebwayo ekyokyebwa, mu kifo ekiri mu kifo ekitukuvu: kubanga ekiweebwayo olw'ekibbiibi nga bwe kiri ekya kabona, ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri kiti: ekyo kitukuvu inu;14kale kabona yairiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango, kabona n'aguteeka ku nsonda y'ekitu ekiryo eky'oyo ayaba okulongoosebwa, no ku kinkumu eky'oku mukono gwe omulyo, ne ku kisaiza eky'okukigere kye ekiryo: 15kale kabona yairiranga ku kibya ky'amafuta, n'agafuka mu ngalo ey'omukono gwe ye omugooda: 16awo kabona yainikanga olunwe lwe olulyo mu mafuta agali mu mukono gwe omugooda, n'amansira ku mafuta n'olunwe lwe emirundi musanvu mu maiso ga Mukama:17no ku mafuta agasigalawo agali mu mukono gwe kabona yagateekanga ku nsonda y'ekitu ekiryo ekw'oyo ayaba okulongoosebwa, no ku kinkumu eky'oku mukono gwe omulyo, no ku kisaiza eky'oku kigere kye ekiryo, ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'omusango: 18n'amafuta agasigalawo agali mu mukono gwa kabona yagateekanga ku mutwe gw'oyo ayaba okulongoosebwa: era kabona yamutangiriranga mu miaso ga Mukama.19Era kabona yawangayo ekiweebwayo olw'ekibbiibi, n'atangirira oyo ayaba okulongoosebwa olw'obutali bulongoofu bwe: oluvanyuma n'aita ekiweebwayo ekyokyebwa: 20era kabona yawangayo ekiweebwayo ekyokyebwa n'ekiweebwayo eky'obwita ku kyoto: era kabona yamutangiriranga, kale yabanga mulongoofu.21Era bweyabbanga omwavu n'atasobola kufuna ebyekankana awo, kale yairiranga omwana gw'entama ogumu omulume okubba ekiweebwayo olw'omusango okuwuubibwa, okumutangirira, n'ekitundu kimu eky'eikumi eky'obwita obusa obutabwirwemu amafuta okubba ekiweebwayo eky'obwita, n'ekibya ky'amafuta; 22na bakaamukuukulu babiri oba amayemba amatomato mabiri, nga bweyasobolanga okufuna; erimu lyabbanga ekiweebwayo olw'ekibbiibi n'erindi ekiweebwayo ekyokyebwa. 23No ku lunaku olw'omunaana yagaleeteranga kabona olw'okulongoosebwa kwe, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, mu maiso ga Mukama.24Awo kabona yairiranga omwana gw'entama ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'ekibya ky'amafuta, kabona n'abiwuuba mu maiso ga Mukama okubba ekiweebwayo ekiwuubibwa: 25n'aita omwana gw'entama ogw'ekiweebwayo olw'omusango, kabona n'atoola ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango, n'aguteeka ku nsonda y'ekitu ekiryo eky'oyo ayaba okulongoosebwa, no ku kinkumu eky'omukono gwe omulyo, no ku kisaiza eky'oku kigere kye ekiryo:26awo kabona yafukanga ku mafuta mu ngalo y'omukono gwe iye omulyo: 27kabona n'amansira n'olunwe lwe olulyo ku mafuta agali mu mukono gwe omugooda emirundi musanvu mu maiso ga Mukama:28kabona n'atoola ku mafuta agali mu mukono gwe n'agateeka ku nsonda y'ekitu okiryo eky'oyo ayaba okulongoosebwa, no ku kinkumu eky'omukono gwe omulyo, no ku kisaiza eky'oku kigere kye ekiryo, mu kifo eky'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'omusango: 29n'amafuta agasigalawo agali mu mukono gwa kabona yagateekanga ku mutwe gw'oyo ayaba okulongoosebwa, akumutangirira mu maiso ga Mukama.30Era yawangayo ku bakaamukuukulu mumu, oba ku mayemba amatomato limu, nga bw'eyasobolanga okufuna; 31nga bweyasbolanga okufuna, erimu lye kiweebwayo olw'ekibbiibi, n'erindi lye kiweebwayo ekyokyebwa, awamu n'ekiweebwayo eky'obwita: era kabona yatangiriranga oyo ayaba okulongoosebwa mu maiso ga Mukama. 32Eryo niilyo eiteeka ly'oyo aliku endwaire y'ebigenge, atasobola kufuna byo kulongoosebwa kwe.33Era Mukama n'akoba Musa na Alooni nti 34Bwe mulibba nga mutuukire mu nsi ye Kanani, gye mbawa okubba obutaka, bwe nateekanga endwaire y'ebigenge mu nyumba ey'omu nsi ey'obutaka bwanyu; 35awo mwene we nyumba yaizanga n'akobera kabona nti Enyumba efaanana gye ndi okubbaamu endwaire:36kale kabona yalagiranga okumalamu ebintu mu nyumba, kabona nga kaali kuyingira kubona ndwaire, byonabyona ebiri mu nyumba bireme okufuuka ebitali birongoofu: oluvannyuma kabona kaisi n'ayingira okubona enyumba: 37kale yakeberanga endwaire, era, bona, endwaire bweyabbanga ku bisenge by'enyumba nga byewumwirewumwire, enguudo oba nga gya nawaadagala oba myofumyofu, n'ekifaananyi kyayo nga kifulumire munda w'ekisenge; 38awo kabona yafulumanga mu nyumba n'ayaba ku mulyango gw'enyumba, n'aigalira enyumba enaku musanvu:39kale kabona yairangawo ku lunaku olw'omusanvu, n'akebera: era, bona, endwaire bw'eyabbanga ebunire ku bisenge by'ennyumba; 40kale kabona yalagiranga okutoolamu amabbaale agaliko endwaire, n'okugasuula mu kifo ekitali kirongoofu ewanza w'ekibuga:41era yalagiranga enyumba okugikolokota munda enjuyi gyonagona, era bafukanga enoni gye bakolokota ewanza w'ekibuga mu kifo ekitali kirongoofu; 42ne bairira amabbaale agandi, ne bagateeka mu kifo ky'amabbaale ago; n'airira enoni egendi, n'agisiiga ku nyumba.43Awo endwaire bweyairangawo n'efuutuuka ku nyumba, ng'amalire okutoolamu amabbaale, era ng'amalire okukolokota enyumba, era ng'emalire okusiigibwaku; 44kale kabona yayingiranga n'akebera, era, bona, endwaire bweyabbanga ebunire ku nnyumba, ebyo nga niibyo bigenge ebirya mu nyumba: nga ti nongoofu.45Awo yayabyanga enyumba, amabbaale gaayo, n'emisaale gyayo, n'enoni yonayona ey'enyumba; era yabisitulanga n'abitoola mu kibuga n'abitwala mu kifo ekitali kirongoofu. 46Era ate buli yayingiranga mu nyumba ekiseera kyonakyona ng'ekaali njigale yabbanga atali mulongoofu Okutuusya akawungeezi. 47Era buli eyagonanga mu nyumba eyo yayozanga engoye gye; n'oyo eyaliiranga mu nyumba eyo yayozanga engoye gye.48Era kabona bweyayingiranga, n'akebera, era, bona, endwaire nga tebunire ku nnyumba, enyumba ng'emalire okusiigibwaku; kale kabona yayatuliranga enyumba nga nongoofu, kubanga endwaire ng'ewonere.49Awo yairiranga olw'okulongoosa enyumba enyonyi ibiri, n'omusaale omwereli, n'olugoye olumyofu, n'ezobu: 50n'aitaku imu ku nyonyi mu kintu ky'eibbumba ku maizi agakulukuta: 51n'aidira omusaale omwerezi n'ezobu n'olugoye olumyofu n'enyonyi enamu, n'abiinika mu musaayi gw'enyonyi eitiibwe, no mu maizi ago agakulukuta, n'amansira ku nyumba emirundi musanvu:52era yalongoosanga enyumba n'omusaayi gw'enyonyi, n'amaizi ago agakulukuta, n'enyonyi enamu, n'omusaale omwereli, n'ezobu, n'olugoye olumyofu: 53Yeena yalekuliranga enyonyi enamu mu itale mu ibbanga okuva mu kibuga: Atyo bweyatangiriranga enyumba: awo yabbanga nongoofu.54Eryo niilyo iteeka ly'engeri yonayona ey'endwaire y'ebigenge, era ery'ekikakampa; 55era ery'ebigenge eby'okukivaalo, era ery'ennyumba; 56era ery'ekizimba, era ery'ekikuta, era ery'embalabe erungwire: 57okwegeresyanga bwe kyabbanga ekitali kirongoofu, era bwe kyabbanga ekirongoofu: eryo niilyo iteeka ly'ebigenge.
1Era Mukama n'akoba Musa n'Alooni nti 2Mukobe abaana ba Isiraeri mubakobere nti Omusaiza yenayena bw’ab aabanga n’enziku eva mu mubiri gwe; nga timulongoofu olw'enziku ye. 3Era buno niibwo bwabbanga obutali bulongoofu bwe obw'enziku ye: oba ng'atoonya enziku mu mubiri gwe, oba nga yaziyizibwa enziku mu mubiri gwe, buno niibwo butali bulongoofu bwe.4Buli kitanda omuziku kyeyagonangaku kyabbanga kitali kirongoofu: era buli kintu ky'eyatyamangaku kyabbanga kitali kirongoofu. 5Era buli eyakomanga ku kitanda kye yayozanga engoye gye, n'anaaba mu maizi, n'abba atali mulongoofu okutuusya olweigulo.6N'oyo eyatyamanga ku kintu kyonakyona omuziku ky'atyaimeku yayozanga engoye gye, n'anaaba mu maizi, n'abba atali mulongoofu Okutuusya olweigulo. 7N'oyo eyakomanga ku mubiri gw'omuziku yayozanga engoye gye, n'anaaba mu maizi, n'abba atali mulongoofu okutuusya olweigulo.8Era omuziku bweyafujanga amatanta ku mulongoofu; kale yayozanga engoye gye, n'anaaba mu maizi, n'abba atali mulongoofu okutuusya olweigulo. 9N'amatandiiko gonagona omuziku geyebagalirangaku gaabbanga agatali malongoofu.10Na buli eyakomanga ku kintu kyonakyona ekibaire wansi we yabbanga atali mulongoofu okutuusya olweigulo: n'oyo eyasitulanga ebyo yayozanga engoye gye, n'anaaba mu maizi, n'abba atali mulongoofu okutuusya olweigulo. 11Na buli omuziku gweyakomangaku, nga akaali kunaaba engalo mu maizi, yayozanga engoye gye, n'anaaba mu maizi, n'abba atali mulongoofu okutuusya olweigulo. 12N'ekintu ky'eibbumba omuziku kyeyakomangaku kyasibwanga: na buli kintu ky'omusaale kyayozebwanga mu maizi.13Era omuziku bweyalongoosebwangaku enziku ye, kale yabaliranga enaku musanvu olw'okulongoosebwa kwe, n'ayoza engoye gye; n'anaaba omubiri gwe mu maizi agakulukuta, n'abba mulongoofu. 14Era ku lunaku olw'omunaana yetwaliranga ba kamukuukulu babiri, oba amayemba amatomato mabiri, naiza mu maiso ga Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'agawa kabona: 15kale kabona yagawangayo, erimu lye kiweebwayo olw'ekibbiibi, n'erindi lye kiweebwayo ekyokyebwa; era kabona yamutangiriranga mu maiso ga Mukama olw'enziku ye.16Era omusaiza yenayena bweyavangamu amaani, kale yanaabanga omubiri gwe gwonagwona mu maizi, n'abba atali mulongoofu okutuusya olweigulo. 17Na buli kivaalo, na buli luwu, omuli amaani, kyayozebwanga n'amaizi, ne kibba ekitali kirongoofu okutuusya olweigulo. 18Era n'omukali omusaiza gw'eyagonanga naye n'amaani, bombiri banaabanga mu maizi, ne babba abatali balongoofu okutuusya olweigulo.19Era omukali bweyabbanga n'enziku, n'enziku ye mu mubiri gwe nga y'omusaayi, yamalanga enaku musanvu egy'okweyawula kwe: na buli eyamukomangaku yabbanga atali mulongoofu okutuusya olweigulo. 20Na buli kintu ky'eyagonangaku mu biseera by'okweyawula kwe kyabbanga ekitali kirongoofu: era buli kintu ky'atyamangaku kyabbanga ekitali kirongoofu.21Na buli ekyakomanga ku kitanda kye yayozyanga engoye gye, n'anaaba mu maizi n'abba atali mulongoofu okutuusya olweigulo. 22Na buli eyakomanga ku kintu kyonakyona ky'atyaimeku yayozyanga engoye gye, n'anaaba mu maizi, n'abba atali mulongoofu okutuusya olweigulo. 23Era bwe kyabbanga ku kitanda, oba ku kintu kyonakyona ky'atyaimeku, bweyakikomangaku, yabbanga atali mulongoofu okutuusya olweigulo.24Era omusaiza yenayena bweyagonanga naye, n'obutali bulongoofu bwe ne bubba ku iye, kale yabbanga atali mulongoofu enaku musanvu; na buli kitanda kyeyagonangaku kyabbanga ekitali kirongoofu.25Era omukali bweyavangamu omusaayi gwe enaku nyingi so nga ti bye biseera eby'okweyawula kwe, oba bweyavangamu omusaayi okusuukirira ebiseera eby'okweyawula kwe; enaku gyonagyona gyeyaviirangamu omusaayi ogw'obutali bulongoofu bwe yabbanga nga bw'aba mu naku egy'okweyawula kwe: oyo nga ti mulongoofu. 26Buli kitanda kyeyagonangaku enaku gyogyona gyeyaviirangamu omusaayi kyabbanga gy'ali ng'ekitanda eky'okweyawula kwe: era buli kyeyatyamangaku kyabbanga ekitali kirongoofu, ng'obutali bulongoofu obw'okweyawula kwe. 27Era buli eyakomanga ku ebyo yabbanga atali mulongoofu, n'ayoza engoye ye, n'anaaba mu maizi, n'abba atali mulongoofu okutuusya olweigulo.28Naye bweyalongoosebwanga olw'omusaayi okumuvaamu, kale yebaliranga enaku musanvu, oluvanyuma kaisi n'abba omulongoofu. 29Awo ku lunaku olw'omunaana yetwaliranga bakaamukuukulu babiri, oba amayemba amatomato mabiri, n'agatwalira kabona, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 30Awo kabona yawangayo erimu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'eddala okubba ekiweebwayo ekyokyebwa; era kabona yamutangiriranga mu maiso ga Mukama olw'okuvaamu omusaayi ogw'obutali bulongoofu bwe.31Mutyo bwe mwayawulanga abaana ba Isiraeri n'obutali bulongoofu bwabwe; baleke okufiira mu butali bulongoofu bwabwe, bwe banaayonoonanga eweema yange eri wakati mu ibo.32Eryo niiryo eiteeka ly'omuziku n'oyo avaamu amaanyi, n'okufuula ne gamufuula atali mulongoofu; 33era ery'omukali alwaire olw'okweyawula kwe, era ery'omuziku, omusaiza, era ery'omukali, era ery'oyo agona n'omukazi atali mulongoofu.
1Mukama n'atumula no Musa, Bataane ba Alooni bombiri nga bamalire okufa, bwe basembeire mu maiso ga Mukama ne bafa; 2Mukama n'akoba Musa nti koba Alooni mugande wo obutamalanga gaiza mu watukuvu munda w'eijiji buli biseera, mu maiso g'entebe ey'okusaasira eri ku sanduuku; aleke okufa: kubanga nabonekeranga mu kireri ku ntebe ey'okusaasira.3Bino Alooni byeyaizanga nabyo mu watukuvu: ng'alina ente enume envubuka okubba ekiweebwayo olw'ekibbiibi, n'entama enume okubba ekiweebwayo ekyokyebwa. 4Eyayambalanga ekizibawo ekyo ekye bafuta ekitukuvu, era yabbanga ne seruwale eyo eye bafuta ku mubiri gwe, era nga yeesibire olukoba olwo olwe bafuta, era ng'atikiire enkoofira eyo eye bafuta; ebyo niibyo ebivaalo ebitukuvu; era yanaabanga omubiri gwe mu maizi, n'abivaala. 5Awo uyatwalanga ku kibiina ky'abaana ba Isiraeri Embuli enume ibiri okubba ekiweebwayo olw'ekiibi, n'entama enume imu okubba ekiweebwayo ekyokyebwa.6Awo Alooni yayanjulanga ente enume ey'ekiweebwayo olw'ekibbiibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira iye n'enyumba ye. 7Awo yatwalanga embuli gyombiri, n'agiteeka mu maiso ga Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.8Awo Alooni yagikubbiranga obululu embuli gyombiri; akalulu akamu ka Mukama, n'akalulu ak'okubiri ka Azazeri. 9Awo Alooni yayanjulanga embuli egwirirweku akalulu ka Mukama, n'agiwaayo okubba ekiweebwayo olw'ekibbiibi. 10Naye embuli egwirirweku akalulu ka Azazeri, yatekebwanga mu maiso ga Mukama nga namu, okumutangirira, okugisindiikirirya eri Azazeri mu idungu.11Awo Alooni yayanjulanga ente enume ey'ekiweebwayo olw'ekibbiibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira iye n'enyumba ye, n'aita ente enume ey'ekiweebwayo olw'ekibbiibi, eyiye ku bubwe:12awo eyairiranga ekyotereryo ekiizwire amanda ag'omusyo ng'agatoola ku kyoto mu maiso ga Mukama, n'engalo gye nga giizwire obubaani obw'akaloosa obusekwirwe inu, n'abuleeta munda w'eijiji: 13awo yateekaaga obubaani ku musyo mu maiso ga Mukama, omwoka ogw'obubaani gubiike ku ntebe ey'okusaasira eri ku bujulizi, aleke okufa:14awo yatoolanga ku musaayi gw'ente enume, n'agumansira n'engalo ye ku ntebe ey'okusaasira ebuvaisana; era yamansiranga ku musaayi mu maiso g'entebe ey'okusaasira n'engalo ye emirundi musanvu.15Awo yaitanga embuli ey'ekiweebwayo olw'ekibbiibi, ey'abantu, n'aleeta omusaayi gwayo munda w'eijiji, n'akola omusaayi gwayo nga bw'akolere omusaayi gw'ente enume, n'agumansira ku ntebe ey'okusaasira, no mu maiso g'entebe ey'okusaasira: 16era yatangiriranga awatukuvu, olw'obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri, n'olw'ebyonoono byabwe, ebibbiibi byabwe byonabona: era bw'atyo bweyakolanga eweema ey'okusisinkanirangamu, ebba nabo wakati mu butali bulongoofu bwabwe.17So temubbanga muntu mu weema ey'okusisinkanirangamu, bweyayingiranga okutangirira mu watukuvu, Okutuusya lweyafulumanga, ng'amalire okwetangirira iye n'enyumba ye n'ekibiina kyonakyona ekya Isiraeri. 18Awo yafulumanga eri ekyoto ekiri mu maiso ga Mukama, n'akitangirira: n'atoola ku musaayi gw'ente enume, no ku musaayi gw'embuli, n'agusiiga ku maziga g'ekyoto enjuyi gyonagona. 19N'akimansiraku omusaayi n'engalo ye emirundi musanvu, n'akirongoosya, n'akitukulya okukitoolaku obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri.20Awo bw'eyamaliranga dala okutangirira awatukuvu, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto, yayanjulanga embuli enamu: 21awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombiri ku mutwe gw'embuli enamu, n'ayatulira ku iyo obutali butuukirivu bwonabwona obw'abaana ba Isiraeri, n'ebyonoono byabwe byonabyona, ebibbiibi byabwe byonabyona; n'abiteeka ku mutwe gw'embuli, n'agisindiikirirya mu idungu mu mukono gw'omuntu eyeeteekereteekere: 22era embuli yasituliranga ku iyo obutali butuukirivu bwabwe bwonabwona n'ebutwala mu nsi ebulamu bantu: kale embuli yagiteeranga mu idungu.23Awo Alooni yayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'ayambula ebivaalo ebya bafuta, by'abbaire avaire ng'ayingiire mu watukuvu, n'abireka eyo: 24awo yanaabiranga omubiri gwe n'amaizi mu kifo ekitukuvu, n'avaala ebivaalo bye, n'afuluma, n'awaayo ekiweebwayo ekyokyebwa ekikye n'ekiweebwayo ekyokyebwa eky'abantu, ne yeetangirira iye n'abantu.25N'amasavu ag'ekiweebwayo olw'ekibbiibi yagookyeryanga ku kyoto. 26N'oyo ateera embuli eri Azazeri yayozanga ebivaalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu maizi, oluvannyuma kaisi n'ayingira mu lusiisira.27N'ente enume ey'ekiweebwayo olw'ekibbiibi, n'embuli ey'ekiweebwayo olw'ekibbiibi, omusaayi gwayo oguyingizibwa okutangirira mu watukuvu, gyafulumizibwanga ewanza w'olusiisira; ne bookyerya mu musyo amawu gagyo, n'enyama yagyo, n'obusa bwagyo. 28N'oyo abyokya yayozanga ebivaalo bye n'anaaba omubiri gwe mu maizi, oluvanyuma kaisi n'ayingira mu lusiisira.29Era lino lyabanga iteeka gye muli emirembe gyonagyona: mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'omwezi olw'eikumi, mwabonerezanga emeeme gyanyu, so temukolanga mulimu gwonagwona, enzaalwa waire omugeni atyama mu imwe: 30kubanga ku lunaku olwo kwe babatangiririranga, okubalongoosya; mwabbanga balongoofu mu bibbiibi byanyu byonabyona mu maiso ga Mukama. 31Olwo ye sabbiiti ey'okuwumula ey'okwewombeekeraku gye muli, era mwabonerezanga emeeme gyanyu: niilyo eiteekali ery'emirembe gyonagyona.32Era kabona, yafukibwangaku amafuta era yayawulibwanga okubba kabona mu kifo kya itaaye, yatangiriranga era yavaalanga ebivaalo ebya bafuta, ebivaalo ebitukuvu: 33era yatangiriranga awatukuvu awaayawulibwa, era yatangiriranga eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto; era yatangiriranga bakabona n'abantu bonabona ab'ekibiina.34Era lino lyabbanga iteeka gye muli eritakyuka emirembe gyonagyona, okutangiriranga abaana ba Isiraeri olw'ebibbiibi byabwe byonabyona omulundi gumu buli mwaka. N'akola nga Mukama bwe yalagiira Musa.
1Mukama n'akoba Musa nti 2tumula na Alooni na bataane be n'abaana ba Isiraeri bonabona, obakobe nti Ekigambo kino Mukama ky'alagiire, ng'atumula nti 3Bwe wabbangawo omuntu yenayena ow'omu nyumba ya Isiraeri, eyaitiranga ente, oba omwana gw'entama, oba embuli, mu lusiisira, oba eyagiitiranga ewanza w'olusiisira, 4n'atagireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okugiwaayo okubba ekitone eri Mukama mu maiso g'enyumba ya Mukama: omusaayi gwamubalirwanga omuntu oyo; ng'ayiwire omusaayi; era omuntu oyo yazikirizibwanga mu bantu be:5abaana ba Isiraeri kaisi nebaleetenga Sadaaka gyabwe, gye baweereireyo mu itale mu ibbanga bagireetenga eri Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona, ne bagiwaayo okubba Sadaaka egy'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama. 6Awo kabona yamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ayokya amasavu okubba eivumbe eisa eri Mukama.7So tebakaali bawayo Sadaaka gyabwe eri embuli enume, gye basengererya okwenda nagyo. Eryo lyaabbanga iteeka gye bali enaku gyonagona mu mirembe gyabwe gyonagona.8Era wabakoba nti Bwe wabbangawo omuntu yenayena ow'omu nyumba ya Isiraeri oba ku bageni abatyamanga mu ibo, yawangayo ekiweebwayo ekyokyebwa oba Sadaaka, 9n'atakireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okukiwaayo eri Mukama; omuntu oyo yazikirizibwanga mu bantu be.10Era bwe wabbangawo omuntu yenayena ow'omu nyumba ya Isiraeri, oba ku bageni abatyanga mu ibo, yalyanga ku musaayi gwonagwona; nateekanga amaiso gange okwolekera omuntu oyo alya ku musaayi, ne muzikirirya mu bantu be. 11Kubanga obulamu bw'enyama buba mu musaayi: era ngubawaire ku kyoto okutangiriranga obulamu bwanyu: kubanga omusaayi gwe gutangirira olw'obulamu.12Kyenaviire nkoba abaana ba Isiraeri nti Tewabbanga ku imwe muntu eyalyanga ku musaayi, so n'omugeni yenayena eyatyamanga mu imwe talyanga ku musaayi: 13Era bwe wabbangawo omuntu yenayena ku baana ba Isiraeri, oba ku bageni abatyanga mu ibo, yakwatanga ensolo yonayona oba nyonyi yonayona eriika ng'ayiiga; yayiwanga omusaayi gwayo, n'agubiikaku n'enfuufu.14Kubanga obulamu bw'enyama yonayona, omusaayi gwayo gubba gumu n'obulamu bwayo: kyenaviire nkoba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku musaayi gwe nyama yonna yonayona: kubanga obulamu bw'enyama yonayona niigwo musaayi gwayo: buli eyagulyangaku yazikirizibwanga.15Era buli muntu yalyanga ku eyo efa yonka, oba etaagwirwe ensolo, oba nzaalwa oba mugeni, yayozanga ebivaalo bye, n'anaaba mu maizi, n'abba atali mulongoofu okutuusya akawungeezi: kaisi n'abba mulongoofu. 16Naye bw'ataabyozenga, n'atanaaba mubiri gwe, kale yabbangaku obutali butuukizivu bwe.
1Mukama n'akoba Musa nti 2Ytumula n'abaana ba Isiraeri, obakobe nti Ninze Mukama Katonda wanyu. 3Ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi y'e Misiri, gye mwatyamangamu, temukolanga mutyo: era ng'ebikolwa bwe biri eby'omu nsi ye Kanani, gye ndibatuusyaamu, temukolanga mutyo: so temutambuliranga mu mateeka gaabwe.4Emisango gyange gye mubba mukolanga, n'amateeka gange ge mubba mwekuumanga, okubitambulirangamu: ninze Mukama Katonda wanyu. 5Kale mwekuumenga amateeka gange n'emisango gyange; ebyo omuntu bweyabikolanga, yabbanga mulamu olw'ebyo: ninze Mukama.6Tewabbanga ku imwe eyasembereranga ow'obuko yenayena, okubikula ku nsoni gye: ninze Mukama. 7Ensonyi gya itaawo, niigyo nsoni gya mawo, tozibikkulangako: ye nnyoko; tobikkulanga ku nsonyi gye. 8Tobiikulanga ku nsoni gy'omusika wa mawo: niigyo ensoni gya itaawo.9Ensoni gya mwannyoko wo azaaliibwe itaawo, azaalibwa mawo, oba yazaaliibwe waika, yazaaliibwe wandi, ensoni gyabwe togibikulangaku. 10Ensoni gya muwala wa mutaane wo, oba muwala wo muwala wo, ensoni gyabwe togibiikulangaku: kubanga ensoni gyabwe nigyo egigyo iwe. 11Ensoni gyo muwala wa mukali wa itaawo, itaawo gw'azaala, oyo mwanyoko, tobikkulanga ku nsonyi gye.12Tobiikulanga ku nsoni gya isenga wo: oyo we buko no itaawo. 13Tobiikulanga ku nsoni gya mugande wa mawo: oyo wo buko no mawo. 14Tobikulanga ku nsoni gya mugande wa itaawo, tosembereranga mukali we: oyo isenga wo.15Tobiikulanga ku nsoni gyo muko mwana wo: oyo muka mutaane wo; tobiikulanga ku nsoni gye. 16Tobiikulanga ku nsoni gyo muka mugande wo: niigyo nsoni gyo mugande wo.17Tobikulanga ku nsoni gy'omukali n'egyo muwala we; totwalanga muwala wa mutaane we, waire muwala wo muwala we, okubiikula ku nsoni gye; abo bo buko: ekyo kibibiibi. 18So totwalanga mukali wamu no mugande we, okubba mwalikwa we, okubikkula ku nsoni gye, wamu no mwinaye, ye ng'akyali mulamu.19So tosembereranga mukali okubikula ku nsoni gye, ng'akaali ayawulibwa olw'obutali bulongoofu bwe. 20So tosulanga no muka muliraanwa wo, okweyonoona naye.21So towangayo ku izaire lyo okubabitya mu musyo eri Moleki, so tovumisyanga liina lya Katonda wo: ninze Mukama.22Togonanga na basaiza, nga bwe bagona n'abakali: ekyo kyo muzizo. 23So togonanga ne nsolo yonnayona, okweyonoona nayo: so n'omukali yenayena tayemereranga mu maiso g'ensolo, okugalamirira nayo: okwo niikwo kutabula.24Temweyonoonanga n'ebyo byonbyona: kubanga olw'ebyo byonabona amawanga goonoonekere ge mbinga mu maiso ganyu: 25n’ensi eyonoonekere: kyenva ngiwalanaku obutali butuukirivu bwayo, n'ensi esesemera dala abagityamamu.26Kale imwe mwekuumenga amateeka gange n'emisango gyange, so temukolangaku ku by'emizizo ebyo byonabona; waire enzaalwa, waire omugeni atyama mu imwe: 27(kubanga eby'emizizo ebyo byonabona abasaiza, ab'omu nsi babikolanga, ababasookere, n’ensi eyonoonekere;) 28ensi ereke okubasesemera dala mwena, bwe mugyonoonanga, nga bwe yasesemeire dala eigwanga eryabasookere.29Kubanga omuntu yenayena bw'eyakolanga kyonakona ku by'emizizo ebyo, abantu abo abaabikola basibwanga okubatoola mu bantu baabwe. 30Kyemwavanga mwekuuma bye mbakuutira, obutakolanga yonnayona ku mpisa egyo ez'emizizo, egyakolebwanga okusooka imwe, n'obuteeyonoonanga n'egyo: ninze Mukama Katonda wanyu.
1Mukama n’atumula no Musa nti 2Tumula n'ekibiina kyonakyona eky'abaana ba Isiraeri, obakobe nti Mwabbanga batukuvu: kubanga ninze Mukama Katonda wanyu ndi mutukuvu. 3Mutyenga buli muntu maye no itaaye, era mwekuumenga sabbiiti gyange: niinze Mukama Katonda wanyu. 4Temukyukiranga bifaanaayi, so temwekoleranga bakatonda basaanuukye: ninze Mukama Katonda wanyu.5Era bwe mwawangayo sadaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama, mwagiwangayo era mwikirizibwe. 6Ku lunaku olwo lwe mwagiweeraagaku kwe mwagiriiranga, no ku lw'amakeeri: era ekintu kyonakyona bwe kyafiikangaku okutuusya ku lunaku olw'okusatu, kyayokyebwanga omusyo. 7Era bwe kyaliibwangaku n'akatono ku lunaku olw'okusatu, kiba kyo muzizo; tekiikirizibwenga: 8naye buli ayakiryangaku yabbangaku obutali butuukirivu bwe, kubanga avumisirye ekintu ekitukuvu ekya Mukama: era omuntu oyo yazikirizibwanga mu bantu be.9Era bwe mwakungulanga ebikungulwa by'ensi yanyu, tomaliranga dala kukungula nsonda gye nimiro yo, so tokuŋaaayanga ebyerebwa ku bikungulwa byo. 10So toyeranga mu lusuku lwo olw'emizabbibu, so tokuŋaanyanga bibala ebikunkumuka mu lusuku lwo olw'emizabbibu; wabirekeranga omwavu n'omugeni: ninze Mukama Katonda wanyu.11Temwibbanga; so temulyazaamaanyanga, so temubbeyagananga mwenka na mwenka. 12temulayiriranga bwereere liina lyange, n'okuvumisya n'ovumisya eriina lya Katonda wo: ninze Mukama.13Tojooganga muliraanwa wo, so tomunyaganga: empeera y'omusenze akolera empeera togonanga ng'oli nayo okukyeesya obwire. 14Tokolimiranga mwigavu wa matu, so tomuteekerangawo nkonge omuduka w'amaiso, naye watyanga Katonda wo: ninze Mukama.15Temusalanga misango egitali gye nsonga: tolowoozanga maiso go mwavu, so toikyangamu kitiibwa maiso go wa maani: naye wasaliranga muliraanwa wo emisango gye nsonga. 16Toibbanga we nimi ng'otambulatambula mu bantu bo; so toyemereranga kulumba musaayi gwo muliraanwa wo: ninze Mukama.17Tokyawanga mugande wo mu mwoyo gwo: tolekanga kunenya muliraanwa wo, oleke okubbaaku ekibbiibi ku lulwe. 18Towalananga igwanga, so tobbanga ne nge yonnayona eri abaana b'abantu bo, naye watakanga muliraanwa wo nga bwe weetaka wenka: ninze Mukama.19Mwekuumenga amateeka gange. Tozaalisyanga nsolo gyo ngeri egitafaanana bumu: tosiganga mu nimiro yo nsigo ey'engeri eibbiri: ekivaalo tekikubikkangaku eky'engeri eibiri egy'olugoye egitabwirwe awamu.20Era buli eyagonanga n'omukali, yena nga muzaana, ng'aliku ibaye amwogerezya, era nga tanunulwanga n'akatono, so nga taweebwanga idembe; babonerezebwanga, tebaitibwanga, kubanga wabula wo busa. 21Awo waleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, embuli enume okubba ekiweebwayo olw'omusango. 22Awo kabona yamutangiriryanga entama enume ey'ekiweebwayo olw'omusango mu maiso ga Mukama olw'ekibbiibi kye yakolere; kale yasonyiyibwanga ekibbiibi kye yakolere.23Era bwe mubbanga mwemereire mu nsi eyo, era nga mumalire okusimba emisaale egy'engeri gyonagyona egiriibwaku, kaisi ne mweta ebibala byagyo obutakomolwa bwagyo: emyaka isatu byabbanga gye muli ng'ebitali bikomole tebiriibwangaku. 24Naye mu mwaka ogw'okuna ebibala byayo byonabyona biribba bitukuvu, olw'okutendereza Mukama. 25No mu mwaka ogw'okutaanu mulirya ku bibala byayo, ebawe ekyengera kyayo: ninze Mukama Katonda wanyu.26Temulyanga kintu kyonakyona wamu n'omusaayi, so temuwanga irogo, so temulagulanga. 27Temumwanga nkiiya, so toyonoonanga nsonda gye kirevu kyo. 28Temwesalanga ku mubiri gwanyu olw'abafu, so temwesalangaku byo buyonjo byonabyona: ninze Mukama.29Tovumisyanga muwala wo, okumufuula omwenzi; ensi ereke okusengererya obwenzi, ensi n'eizula ekibbiibi. 30Mwekuumenga sabbiiti gyange, era mutyenga awatukuvu wange: niize Mukama.31Temukyukiranga abo abasamira emizimu, waire abalogo; temubanoonianga, okwonooneka olw'abo: ninze Mukama Katonda wanyu.32Oseguliranga alina envi, era oteekangamu ekitiibwa amaiso g'omukaire, era otyanga Katonda wo: ninze Mukama.33Era Omugeni bweyatyamanga naiwe mu nsi yanyu, temumukolanga kubbiibi. 34Omugeni yatyamanga naimwe yabbanga gye muli ng'enzaalwa mu imwe, era omutakanga nga bwe wetaka wenka, kubanga mwabbaire bagenyi mu nsi y'e Misiri: ninze Mukama Katonda wanyu.35Temukolanga ebitali byo butuukirivu okusala emisango, okupima emikono, okupimira mu minzaani, waire okugera. 36Mwbbanga ne minzaani ntuufu, n'ebigera bituufu, efa ntuufu, ne ini ntuufu: ninze Mukama Katonda wanyu, eyabatoire mu nsi y'e Misiri. 37Era mukwatenga amateeka gange gonagona, n'emisango gyange gyonagyona, ne mubikolanga: ninze Mukama.
1Mukama n'akoba Musa nti 2Era ate koba abaana ba Isiraeri nti Bwe wabbangawo omuntu yenayena ku baana ba Isiraeri, oba ku bageni abatyama mu Isiraeri, yawangayo ku izaire lye eri Moleki: talekanga kwitibwa: abantu ab'omu nsi bamukubbanga amabbaale.3Era nzena namwolekeryanga amaiso gange omuntu oyo, ne muzikirirya okumutoola mu bantu be; kubanga awaireyo ku izaire lye eri Moleki, okwonoona awatukuvu wange, n'okuvumisya eriina lyange eitukuvu. 4Era abantu ab'omu nsi bwe bagisanga n'akatono amaiso gaabwe omuntu oyo, bweyawangayo ku izaire lye eri Moleki, ne batamwita: 5awo namwolekeryanga obwenyi bwange omuntu oyo na bagande be, ne muzikirirya iye n'abo bonabona abamugoberera okwenda, okwenda no Moleki, okubatoola mu bantu baabwe.6N'omuntu eyakyukiranga abo abasamira emizimu, n'abalogo, okubasengererya okwenda, namwolekeryanga obweni bwange omuntu oyo ne muzikirirya okumutoola mu bantu be. 7Kale mwetukulyenga mubbenga abatukuvu: kubanga ninze Mukama Katonda wanyu.8Era mwekuumenga amateeka gange, mugakolenga: ninze Mukama abatukulya. 9Kubanga buli eyakolimiranga itaaye oba maye talemanga kwitibwa: ng'akolimiire itaaye oba maye; omusaayi gwe gwabbanga ku iye.10N'omuntu eyayendanga ku Mukali w'omusaiza omulala, yayendanga ku Mukali wa muliraanwa we, omwenzi omusaiza n'omwenzi omukali tebalekanga kwitibwa. 11N'omusaiza eyagonanga no Mukali wa itaaye, ng'abikwire ku nsoni gya itaaye: bombiri tebalekanga kwitibwa; omusaayi gwabwe gwabbanga ku ibo. 12Era omusaiza bweyagonanga no muka mwana we, bombiri tebalekanga kwitibwa: nga bakolere okutabula; omusaayi gwabwe gwabbanga ku niibo.13Era omusaiza bweyagonanga N'omusaiza, nga bwe yandigonere n'abakali, bombiri nga bakolere eky'omuzizo: tebalekanga kwitibwa; omusaayi gwabwe gwabbanga ku niibo. 14Era omusaiza bweyakwanga omukali no maye, ekyo kibbiibi: bayokyebwanga omusyo iye nabo; muleke okubba ekibbiibi mu imwe.15Era omusaiza bweyagonanga n'ensolo, talekenga kwitibwa: era mwaitanga ensolo eyo. 16Era omukali bweyasembereranga ensolo yonayona, n'agalamiriira nayo, omwitanga omukali oyo n'ensolo: tebireanga kwitibwa; omusaayi gwabyo gwabbanga ku ibyo.17Era omusaiza bweyakwanga mwanyoko we, muwala wa itaaye, oba muwala wa maye, n’abona ensoni gye, yeena n'abona ensoni gye; niikyo kigambo eky'obuwemu; era bazikirizibwanga mu maiso g'abaana b'abantu baabwe: ng'abikwire ku nsoni za mwanyoko we; babbangaku obutali butuukirivu bwe. 18Era omusaiza bweyagonanga n'omukali aliku endwaire ye, n'abikkula ku nsoni gye; ng'afiire obwereere ensulo ye, naye ng'abiikwire ku nsulo y'omusaayi gwe: awo bombiri bazikirizibwanga okutoolebwa mu bantu baabwe.19So tobiikulanga ku nsoni gyo mugande wa mawo; waire egya mwanyoko wa itaawo: kubanga afiire obwereere ow'obuko: babatolangaku obutali butuukirivu bwabwe. 20Era omusaiza bweyagonanga no Mukali wa koiza we, ng'abikwire ku nsoni gya koiza we: babbangaku ekibbiibi kyabwe; balifa nga babula baana. 21Era omusaiza bweyakwanga Mukali wo mugande we, bwe butali bulongoofu: ng'abikwire ku nsoni gya mugande we; tebalibba na baana.22Kyemwavanga mwekuuma amateeka gange gonagona, n'emisango gyange gyonagyona, ne mubikolanga: ensi, gye mbayingiryamu okutyama omwo, erekenga okubasesemera dala. 23So temutambuliranga mu mpisa gy'eigwanga, lye mbinga mu maiso ganyu: kubanga bakolanga ebyo byonabona, era Kyenviire mbakyawa.24Naye nabakobere imwe nti Mulisikira ensi yaabwe, nzena ndigibawa okugirya, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjoki; ninze Mukama Katonda wanyu, eyabawiire mu mawanga. 25Kyemwavanga mwawula ensolo enongoofu n'eteri nongoofu, n'enyonyi eteri nongoofu n'enongoofu: so temufuulanga meeme gyanyu za mizizo olw'ensolo, oba olw'enyonyi, oba olw'ekintu kyonakona eky'ekulula ku nsi, bye nayawiire gye muli obutabba birongoofu:26Era mwabbanga batukuvu gye ndi: kubanga ninze Mukama ndi mutukuvu, era nabaawire mu mawanga mubbe abange.27Era omusaiza oba omukali asamira omuzimu, oba omulogo, talekanga kwitibwa; babakubbanga amabbaale: omusaayi gwabwe gwabbanga ku ibo.
1Mukama n'akoba Musa nti Tumula na bakabona Bataane ba Alooni, obakobe nti Tewabbangawo muntu eyeeyonoona olw'abo abafire ku bantu be; 2wabula olwa bagande be, abamuli okumpi mu luganda, maye no itaaye no mutaane we no muwala we no mugande we; 3n'olwo mwanyoko we atamanyanga musaiza, amuli okumpi mu lugande, abula ibaaye, olw'oyo asobola okweyonoona.4Tayonoonanga, bw'abba omukulu mu bantu be, okwevumisya. 5Tebamwanga mpaata ku mutwe gwabwe, so tebamwanga nsonda gye kirevu kyabwe, so tebeesalanga n'akatono ku mubiri gwabwe. 6Babbanga batukuvu eri Katonda waabwe, so tebavumisanga liina lya Katonda waabwe: kubanga bawaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omusyo, niigwo mugaati gwa Katonda waabwe: kyebaavanga babba abatukuvu.7Tebakwanga mukali mwenzi,oba aliku empitambiibbi; so tebakwanga mukali eyabbingibwe ibaye: kubanga mutukuvu eri Katonda we. 8Kyewavanga omutukulya; kubanga awaayo omugaati gwa Katonda wo: yabvanga mutukuvu gy'oli: kubanga ninze Mukama abatukulya ndi mutukuvu. 9Era muwala wa kabona yenayena, bweyevumisyanga nga yeefuula omwenzi, ng'avumisya itaaye: yayokyebwaaga omusyo.10N'oyo yabbanga kabona asinga obukulu mu bagande be, afukibwaku ku mutwe amafuta agafukibwaku, era ayawulibwa okuvaala ebivaalo ebyo, tasumululanga nziiri gyo ku mutwe gwe, so takanulanga ngoye gye; 11so tayingiranga eri omulambo gwonagwona, so teyeeyonoonanga olwa itaaye, waire olwa maye; 12so tafulumanga mu watukuvu, so tavumisyanga watukuvu wa Katonda we; kubanga engule ey'amafuta agafukibwaku aga Katonda galiwo ku iye: ninze Mukama.13Era yakwanga omukali nga kaali kumanya musaiza. 14Namwandu oba eyabbingiibwe oba aliku empitambiibbi, omwenzi, abo tabakwanga: naye omuwala atamanyanga musaiza ow'oku bantu be gweyakwanga. 15So tavumisyanga izaire lye mu bantu be: kubanga nze ndi Mukama amutukulya.16Mukama n’akoba Musa nti 17Koba Alooni nti Buli muntu yenayena ow'oku izaire lyo mu mirembe gyabwe gyonagyona yabbangaku obuleme, tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we.18Kubanga buli muntu yenayena eyabbangaku obuleme tasemberanga: omuzibe w'amaiso oba awenyera oba eyayonoonekere enyindo, oba aliko ekintu kyonakyona ekisuukirira, 19oba eyamenyekere okugulu, oba eyamenyekere omukono, 20oba alina eibbango, oba mututuuli, oba aliku obuleme ku liiso lye, oba alina obuwere, oba mubootongo, oba eyayatikire enjagi; 21tewabbangawo muntu wa ku uzaire lya Alooni kabona, aliku obuleme, eyasemberanga okuwaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omusyo: ng'aliku obuleme; tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we.22Yalyanga ku mugaati gwa Katonda we, ku mugaati omutukuvu einu, era no ku mutukuvu. 23Kyooka tayingiranga awali eijiji, so tasembereranga kyoto, kubanga aliku obuleme; alemenga okuvumisya awatukuvu wange: kubanga nze ndi Mukama atukulyawo. 24Awo Musa n'akoba Alooni atyo na Bataane be n'abaana bonabona aba Isiraeri.
1Mukama n'akoba Musa nti 2Koba Alooni na Bataane be, beewalenga ebintu ebitukuvu eby'abaana ba Isiraeri, bye batukukya gye ndi, era balemenga okuvumisya eriuna lyange eitukuvu: ninze Mukama. 3Bakobe nti Buli muntu yenayena ow'oku izaire lyanyu lyonalyona mu mirembe gyanyu gyonagona, yasembereranga ebintu ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye batukulya eri Mukama, ng'aliku obutali bulongoofu bwe, obulamu obwo bwazikirizibwanga mu maiso gange: ninze Mukama.4Buli muntu yenayena ow'oku izaire lya Alooni aliko ebigenge oba alina enziku, talyanga ku bintu ebitukuvu okutuusya lw'alibba omulongoofu. Era buli eyakomanga ku kintu kyonakyona ekitali kirongoofu olw'abafu, oba omuntu avaamu amaanni; 5oba buli eyakomanga ku kyewalula kyonakyona ekisobola okumufuula atali mulongoofu, oba ku muntu asobola okumusiiga obutali bulongoofu, obutali bulongoofu bwonabwona bwaliku; 6obulamu obwo obwakomanga ku ebyo byonabona yabbanga atali mulongoofu okutuusya olw'eigulo, so talyanga ku bintu ebitukuvu, wabula ng'anaabire omubiri gwe mu maizi.7Awo eisana ng'alizwire, yabbanga mulongoofu; oluvannyuma yalyanga ku bintu ebitukuvu, kubanga niigwo mugaati gwe. 8Ekyafanga kyonka, oba ekyataagulwataagulwanga ensolo, talyangaku okweyonoona nakyo: ninze Mukama. 9Kyebaavanga beekuuma kye nanabagisisirye, balekenga okubbaaku ekibbiibi olw'ekyo, ne bafiira mu ikyo bwe bakivumisyanga: nze ndi Mukama abatukulya.10Tewabbangawo mugeni eyalyanga ku kintu ekitukuvu: omutambuli ali no kabona, oba omusenze akolera empeera, talyanga ku kintu ekitukuvu. 11Naye kabona bweyagulanga obulamu bwonabwona, agulibwa n'ebintu bye, oyo yalyangaku; n'abo abazaaliirwe mu nyumba ye, abo baalyanga ku mugaati gwe.12Era muwala wa kabona bweyafumbirwanga Omugeni, talyanga ku kiweebwayo ekisitulibwa ku bintu ebitukuvu. 13Naye muwala wa kabona bw'abbanga namwandu, oba eyabbigiibwe, era nga abula mwana, era ng'airirewo mu nyumba ya itaaye, nga mu butobuto bwe, yalyanga ku mugaati gwa itaaye: naye tewabbangawo mugeni yalyanga ku igwo.14Era omuntu bweyalyanga ku kintu ekitukuvu nga tamanyiriire, kale akigaitangaku ekitundu kyakyo eky'okutaanu, n'awa kabona ekintu ekitukuvu. 15So tebavumisyanga bintu bitukuvu bya baana ba Isiraeri, bye bawaayo eri Mukama; 16ne babaleetaku ( batyo) obutali butuukirivu obuleeta omusango, bwe balya ku bintu byabwe ebitukuvu: kubanga nze ndi Mukama abatukulya.17Mukama n'akoba Musa nti 18Tumula na Alooni na Bataane be n'abaana bonabona aba Isiraeri, obakobe nti Buli muntu yenayena ow'oku nyumba ya Isiraeri, oba ku bageni abali mu Isiraeri, eyawangayo ekitone kye, bwe kyabbanga obweyamu bwabwe bwonabwona, oba ekiweebwayo kyonakyona kye bawaayo ku bwabwe, kye bawaayo eri Mukama okubba ekiweebwayo ekyokyebwa; 19(mwawangayo) enume ebulaku buleme ku nte, ku ntama, oba ku mbuli, kaisi mwikirizibwe.20Naye ekintu kyonakyona ekiriku obuleme, ekyo temukiwangayo: kubanga tekyabbenga kyo kwikirizibwa ku lwanyu. 21Era buli eyawangayo Sadaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama okutuukirirya obweyamu, oba okubba ky'awaayo ku bubwe, ku nte oba ku mbuli, yabbbanga ntuukirivu kaisi eikirizibwe; tebbangaku buleme.22Enzibe y'amaiso, oba emenyefu, oba eneme, oba eriko amabbwa oba obuwere oba kabootongo, egyo temugiwangayo eri Mukama, so temubifuulanga ekiweebwayo n'omusyo eri Mukama ku kyoto. 23Oba ente oba omwana gw'entama eriku ekintu kyonakyona ekisuukirira oba ekitatuuka mu bitundu byayo, eyo osobola okuwaayo okubba ky'owaayo ku bubwo: naye okubba obweyamo teikirizibwenga.24Eyabetentebwa enjagi zaayo, oba eyanyigiibwe, oba eyayatiukir, oba eyasaliibweku egyo, temugiwangayo eri Mukama; so temukolanga mutyo mu nsi yanyu. 25So no mu mukono gwo munaigwanga temuwangayo mugaati gwa Katonda wanyu ogwabira ku egyo gyonagyona; kubanga okwonooneka kwagyo kuli mu niigyo, giriku obuleme: tigyaikirizibwenga ku lwanyu.26Mukama n'akoba Musa nti 27Ente oba ntama oba mbuli bweyazaalibwanga, yamalanga enaku musanvu ng'eyonka maye waayo; awo okuva ku lunaku olw'omunaana n'okusingawo yaikirizibwanga okubba ekitone ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama.28Era bw'ebba ente oba ntama, temugitanga iyo n'omwana waayo byombiri ku lunaku lumu. 29Era bwe mwawangayo Sadaaka ey'okwebalya eri Mukama, mwagiwangayo kaisi mwikirizibwe. 30Yaliirwanga ku lunaku olwo; temugisigalyangaku okutuusya Amakeeri: ninze Mukama.31Kyemwavanga mwekuuma ebiragiro byange, ne mubikola: ninze Mukama. 32So temuvumisyanga liina lyange eitukuvu; naye ntaka okutukuzibwanga mu baana ba Isiraeri: ninze Mukama abatukulya, 33eyabatoire mu nsi y'e Misiri okubba Katonda wanyu: ninze Mukama.
1Mukama n'akoba Musa nti 2Tumula n'abaana ba Isiraeri, obakobe nti Embaga endagire egya Mukama, gye mwalangiranga okubba okukuŋaana okutukuvu, gino niigyo mbaga gyange endagire.3Enaku omukaaga gyakolerwangaku omulimu: naye ku lunaku olw'omusanvu niiyo sabbiiti ey'okuwumula ey'okwewombekeraku, okukuŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonagwona: olwo sabbiiti eri Mukama mu nyumba gyanyu gyonagyona.4Gino niigyo rmbaga endagire egya Mukama, niikwo kukuŋaana okutukuvu, gye mwalangiranga mu ntuuko zaazo endagire. 5Mu mwezi ogw'oluberyeberye, ku lunaku olw'eikumi n'eina akawungeezi, niikwo Kubitaku kwa Mukama. 6No ku lunaku olw'eikumi n'eitaanu olw'omwezi ogwo niiyo embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa eri Mukama: mwaliiranga enaku musanvu emigaati egitazimbulukuswa.7Ku lunaku olw'oluberyeberye mwabbanga n'okukuŋaana okutukuvu: temukolanga mulimu gwonagwona ogw'emikono. 8Naye mwaweerangayo enaku musanvu ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama: ku lunaku olw'omusanvu gwabbangawo okukuŋaana okutukuvu; te mukolanga mulimu gwe mikono.9Mukama n'akoba Musa nti 10tumula n'abaana ba Isiraeri, obakobe nti Bwe mulimala okuyingira mu nsi gye mbawa, ne mukungula ebikungulwa byayo, Kaisi ne muleeta ekinywa eky'ebiberyeberye eby'ebikungulwa byanyu eri kabona: 11naye yawuubawuubanga ekinywa mu maiso ga Mukama, okwikirizibwa ku lwanyu: ku lw'amakeeri olwiririra sabbiiti kabona kw'anaakiwuubirawuubiranga.12Era ku lunaku kwe munaawuubirawuubiranga ekinywa, mwawangayo omwana gw'entama omulume ogubulaku buleme ogukaali kumala mwaka gumu okubba ekiweebwayo ekyokyebwa eri Mukama. 13N'ekiweebwayo kyaku eky'obwita kyabbanga ebitundu bibiri eby'eikumi ebya efa eby'obwita obusa obutabwirwemu amafuta, ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama okubba eivumbe eisa: n'ekiweebwayo kyaku eky'okunywa kinaabbanga kye nviinyu, ekitundu eky'okuna ekya ini. 14So temulyanga mugaati waire eŋaanu ensiike waire ebiyemba ebibisi, Okutuusya olunaku olwo, okutuusya lwe mwamalanga okuleeta ekitone kya Katonda wanyu: niilyo eiteeka eritaliwaawo mu mirembe gyanyu gyonagyona mu nyumba gyanyu gyonagyona.15Era mwebaliranga okuva ku lw'amakeeri olwiririra sabbiiti, okuva ku lunaku kwe mwaleeteire ekinywa eky'ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa; waabbangawo sabbiiti musanvu enamba: 16okutuusya olw'makeeri olwiririra sabbiiti ey'omusanvu mwabalanga enaku ataanu: awo mwawangayo ekiweebwayo eky'obwita obuyaka eri Mukama.17Mwafulumyanga mu nyumba gyanyu emigaati ibiri egiwuubibwawuubibwa egy'ebitundu ebibiri eby'eikumi ebya efa: gyabbanga gyo bwita busa, gyayokyebwanga n'ekizimbulukusya, okubba ebiberyeberye eri Mukama. 18Era mwaleetanga wamu n'emigaati abaana b'entama musanvu ababulaku buleme abakaali kumala mwaka gumu, n'ente entonto imu, n'entama enume ibiri: gyabbanga ekiweebwayo ekyokyebwa eri Mukama, wamu n'ekiweebwayo kyaku eky'obwita, n'ebiweebwayo byaku eby'okunywa, niikyo kiweebwayo ekikolebwa n'omusyo, eky'eivumbe eisa eri Mukama.19Era mwawangayo Embuli enume imu okubba ekiweebwayo olw'ekibbiibi, n'abaana b'entama abalume babiri abakaali kumala mwaka gumu okubba sadaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe. 20Kale kabona yagiwuubanga wamu n'emigaati egy'ebiberyeberye okubba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maiso ga Mukama, wamu n'abaana b'entama bombiri: byabbanga bitukuvu eri Mukama bya kabona. 21Era mwalangiranga ku lunaku olwo; wabbangawo okukuŋana okutukuvu gye muli: temukolanga mulimu gwonagwona ogw'emikono: niilyo eiteeka eritaliwaawo mu nyumba gyanyu gyonagona mu mirembe gyanyu gyonagyona.22Era bwe mwakungulanga ebikungulwa eby'ensi yanyu, tomaliranga dala kukungula nsonda gye nimiro yo, so tolondanga ebyerebwa eby'ebikungulwa byo: wabirekeranga omwavu n'omugeni: ninze Mukama Katonda wanyu.23Mukama n'akoba Musa nti 24Koba abaana ba Isiraeri nti Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'oluberyeberye olw'omwezi, wabbangawo okuwumula okw'okwewombeeka gye muli, ekijukiryo eky'okufuuwa amakondeere, okukuŋaana okutukuvu. 25Temukolanga mulimu gwonagwona ogw'emikono: era mwawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama.26Mukama n'akoba Musa nti 27Naye ku lunaku olw'eikumi olw'omwezi niigwo ogw'omusanvu niilwo lunaku olw'okutangiririraku: lwabbanga kukuŋaana kutukuvu gye muli, mweena mwabonerezanga obulamu bwanyu; era mwawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama.28So temukolanga mulimu gwonagwona ku luaaku olwo: kubanga niilwo lunaku olw'okutangiririraku, okubatangirira mu maiso ga Mukama Katonda wanyu. 29Kubanga buli bulamu bwonabwona obutaabonerezebwenga ku lunaku olwo, yazikirizibwanga mu bantu be.30Era buli bulamu bwonabwona obwakolanga omulimu gwonagwona ku lunaku olwo, obulamu obwo nabuzikiriryanga mu bantu be. 31Temukolanga mulimu gwonagwona: niilyo iteeka eritaliwaawo mu mirembe gyanyu gyonagyona mu nyumba gyanyu gyonagyona. 32Lwabbanga gye muli sabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekeraku, naimwe mwabonerezanga obulamu bwanyu: ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi Olweigulo, okusooka Olweigulo okutuusya Olweigulo, mwekuumanga sabbiiti yanyu.33Mukama n’akoba Musa nti 34Koba abaana ba Isiraeri nti Ku lunaku olw'eikumi n'eitaanu olw'omwezi guno ogw'omusanvu waabbangawo embaga ey'ensiisira okumala enaku musanvu eri Mukama.35Ku lunaku olw'oluberyeberye wabbangawo okukuŋaana okutukuvu: temukolanga mulimu gwonagwona ogw'emikono. 36Mwaweerangayo enaku musanvu ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama: ku lunaku olw'omunaana wabbangawo okukuŋaana okutukuvu gye muli; mweena mwawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama: nikwo kukuŋaana okukulu; temukolanga mulimu gwonagwona ogw'emikono.37Egyo niigyo mbaga endagire egya Mukama, gye mwalangiranga okubba okukuŋaana okutukuvu okuwangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama, ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obwita, sadaaka, n'ebiweebwayo eby'okunywa, kimu ku kimu ku lunaku lwakyo: 38obutateekaku sabbiiti gya Mukama, n'ebirabo byanyu, n'obweyamo bwanyu bwonabwona, n'ebyo byonabyona bye muwaayo ku bwanyu, bye muwa Mukama.39Naye ku lunaku olw'eikumi n'eitaanu olw'omwezi ogw'omusanvu, bwe mwamalanga ok'ukungula ebibala by'ensi, mwekuumiranga embaga ya Mukama enaku musanvu: ku lunaku olw'oluberyeberye wabbangawo okuwummula okw'okwewombeeka, no ku lunaku olw'omunaana wabbangawo okuwummula okw'okwewombeeka.40Era ku lunaku olw'oluberyeberye mwetwaliranga ebibala by'emisaale emisa, amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emisaale emiziyivu, n'emisaale egy'oku mwiga; era mwasanyukiranga enaku musanvu mu maiso ga Mukama Katonda wanyu. 41Era mwagyekuumiranga okubba embaga eri Mukama enaku musanvu buli mwaka: niilyo eiteka eritaliwaawo mu mirembe gyanyu: mwagyekuumiranga mu mwezi ogw'omusanvu.42Mwamalanga enaku musanvu mu nsiisira: enzaalwa bonabona ab'omu Isiraeri batyamanga mu nsiisira: 43emirembe gyanyu kaisi gimanyenga nga natyamisirye abaana ba Isiraeri mu nsiisira, bwe nabatoire mu nsi y'e Misiri: ninze Mukama Katonda wanyu. 44Awo Musa n'akobera abaana ba Isiraeri embaga endagire eza Mukama.
1Mukama n'akoba Musa nti 2Lagira abaana ba Isiraeri, bakuleetere amafuta amasa aga zeyituuni amakubbe olw'etabaaza, okwakyanga etabaaza olutalekula.3Ewanza w'eijiji ery'obujulizi, mu weema ey'okusisinkanirangamu, Alooni weyagirongoosereryanga okusooka Olweigulo okutuusya Amakeeri mu maiso ga Mukama olutalekula: lyabbanga iteeka eritaliwaawo mu mirembe gyanyu gyonagyona. 4Etabaaza yagirongoosereryanga ku kikondo ekirongoofu mu maiso ga Mukama olutalekula.5Era wairiranga obwita obusa, n'otoolamu emigaati ikumi n'eibiri emyokye: ebitundu bibiri eby'eikumi ebya efa byabbanga mu mugaati gumu. 6Era wagitegekanga embu ibiri, buli lubu mukaaga, ku meenza enongoofu mu maiso ga Mukama.7Era wateekanga omusita omulongoofu ku buli lubu, gubbenga ekijjukiryo eri emigaati, ekiweebwayo ekikolebwa n'omusyo eri Mukama. 8Buli sabbiiti yagitegekanga mu maiso ga Mukama olutalekula; niiyo ndagaanu eteriwaawo ku lw'abaana ba Isiraeri. 9Era gyabbanga gya Alooni ne Bataane be; era bagiriiranga mu kifo ekitukuvu: kubanga mitukuvu inu gyali ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omusyo olw'eiteeka eritaliwaawo.10Awo mutaane w'omukali Omuisiraeri, itaaye Mumisiri, n'afuluma n'ayaba mu baana ba Isiraeri: mutaane w'omukali Omuisiraeri n'omusaiza wa Isiraeri ne bawakanira mu lusiisira; 11mutaane w'omukali Omuisiraeri n'avoola Eriina n'akolima; ne bamuleetera Musa. No maya eriina lye Seromisi, muwala wa Dibuli, ow'omu kika kya Daani. 12Ne bamusiba kaisi bakoberwe mu munwa gwa Mukama.13Mukama n'akoba Musa nti 14Oyo alamire mumufulumye ewanza w'olusiisira; n'abo bonabona abamuwuliire bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, ekibiina kyonakyona kimukubbe amabbaale.15Era wakoba abaana ba Isiraeri nti Buli eyalamanga Katonda we yabbangaku ekibbiibi kye. 16N'oyo eyavoolanga eriina lya Mukama talekanga kwitibwa; ekibiina kyonakyona tekirekanga kumukubba mabbale: Omugeni naye era n'enzaalwa, bweyavoolanga eriina lya Mukama, yaitibwanga.17N'oyo eykubbanga omuntu yenayena n'amwita talekanga kwitibwa; 18n'oyo eyakubbanga ensolo n'agiita yagiriwanga: obulamu olw'obulamu.19Era omuntu bweyalemalyanga muliraanwa we; nga bw'akolere, bweyakolebwanga atyo; 20ekinuule olw'ekinuule, eriiso olw'eriiso, eriinu olw'eriinu: nga bw'alemairye omuntu, bweyasasulibwanga atyo. 21N'oyo eyaitanga ensolo yagiriwanga: n'oyo eyaitanga omuntu yaitibwanga.22Mwabbanga n'eiteeka limu eri omugeni era n'enzaalwa: kubanga ninze Mukama Katonda wanyu. 23Awo Musa n'akoba abaana ba Isiraeri, oyo eyalaamire ne bamufulumya ewanza w'olusiisira; ne bamukubba amabbaale. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Mukama bwe yalagiire Musa.
1Mukama n'akobera Musa ku lusozi Sinaayi nti 2Tumula n'abaana ba Isiraeri, obakobe nti Bwe muliyingira mu nsi gye mbawaire, ensi kaisi n'eyeekuuma sabbiiti eri Mukama.3Enimiro yo wagisigiranga emyaka mukaaga, n'olusuku lwo olw'emizabbibu walusaliriranga emyaka mukaaga, n'okungula ebibala byalwo; 4naye mu mwaka ogw'omusanvu wabbangawo sabbiiti ey'okuwumula ey'okwewombeekeraku eri ensi, sabbiiti eri Mukama: tosiganga nimiro yo, so tosaliranga lusuku lwo.5Ekyo ekimera kyonka ku bikungulwa byo tokikungulanga, ne izabbibu egy'oku muzabbibu gwo ogutali musalire toginoganga: gwabbanga mwaka gwo kuwumula okw'okwewombeeka eri ensi. 6Era sabbiiti ey'ensi yabbanga kyo kulya gye muli; eri iwe n'eri omwidu wo n'omuzaana wo, n'omusenze wo akolera empeera n'omugeni wo atyama naiwe; 7n'eri ebisibo byo n'ensolo egiri mu nsi yo, ekyengera kyayo kyonakyona kyabbanga kyo kulya.8Era webaliranga sabbiiti musanvu egy'emyaka, emyaka musanvu emirundi musanvu; era wabbangawo gy'oli enaku egya sabbiiti musanvu egy'emyaka, niigyo myaka ana mu mwenda.9Awo kaisi n'otambulya eikondeere ery'eidoboozi einene ku lunaku olw'eikumi olw'omwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'okutangiririraku kwe mwatambuliryanga eikondeere okubunya ensi yanyu yonayona.10Era mwatukulyanga omwaka ogw'ataanu, ne mulangira eidembe mu nsi yonayona eri abo bonabona abagityamamu: gwabbanga jubiri gye muli; era mwairangawo buli muntu mu butaka bwe, era mwairangawo buli muntu mu nda gye.11Omwaka ogwo ogw'ataanu gwabbanga jubiri gye muli: temusiganga, so temukungulanga ekyo ekimera kyonka mu igwo so temunoganga mu igwo ku mizabbibu egitali misalire. 12Kubanga jubiri; gwabbanga mutukuvu gye muli: mwalyanga ekyengera kyagwo nga mukitoola mu nimiro.13Mu mwaka ogwo ogwa jubiri niimwo mwe mwairirangawo buli muntu mu butaka bwe. 14Era mwewagulyanga muliraanwa wo ekintu kyonakyona, oba byewagulanga mu mukono gwa muliraanwa wo, temulyazaamaanyagananga:15ng'omuwendo gw'emyaka bwe guli egiiriire jubiri, bwewagulaananga no muliraanwa wo, era ng'omuwendo gw'emyaka egy'ebikungulwa bwe guli bweyanakugulyanga. 16Ng'emyaka bwe gyenkananga obungi bwewatumulanga otyo ku muwendo gwakyo, era ng'emyaka bwe gyekankananga obutono bwewasalanga otyo ku muwendo gwakyo; kubanga omuwendo gw'ebikungulwa gw'akugulirye. 17So temulyazaamaanyagananga; naye otyanga Katonda wo: kubanga ninze Mukama Katonda wanyu.18Kye mwavanga mukola amateeka gange, ne mwekuumanga emisango gyange ne mugikola; era mutyamanga mu nsi mirembe. 19Era ensi yabalanga ebibala byayo, naimwe mwalyanga okwikuta, ne mutyama omwo mirembe.20Era bwe mwatumulanga nti Tulirya ki mu mwaka ogw'omusanvu? Bona, tetulisiga, so tetulikungula kyengera kyaisu: 21kale nalagiranga omukisa gwange okubba ku imwe mu mwaka ogw'omukaaga, era gwabalanga ebibala eby'emyaka gyonsatu. 22Era mwasiganga mu mwaka gw'omunaana, ne mulya ku bibala ebyagisiibwe eira; okutuusya ku mwaka ogw'omwenda, ebibala byayo lwe birituuka, mwalyanga ku byagisiibwe eira.23So ensi tetundibwanga okugiviiramu dala enaku gyonagyona; kubanga ensi yange: kubanga muli bageni era abatambuli gye ndi. 24No mu nsi yonayona ey'obutaka bwanyu mwaikiriryanga ensi okununulibwa. 25Mugande wo bw'abba ng'ayavuwaire, n'atunda ku butaka bwe, kale mugande we asinga okumubba okumpi mu luganda yaizanga, n'anunula ekyo mugande we ky'atundire.26Era omuntu bw'atabbangaku eyakinunula, era ng'agaigawaire n'abona ebyamala okukinunula; 27awo abalenga emyaka gye kyatundiirwemu n'airirya ebisukiriiremu amuntu gwe yakigulirye; Yeena yairyanga mu butaka bwe. 28Yeena bw'abba nga tasobola kukyeirirya, kale ekyo kye yatundire kyabbanga mu mukono gw'oyo eyakigulire okutuusya ku mwaka gwa jubiri: awo kyayabiranga mu jubiri, Yeena yairyanga mu butaka bwe.29Era omuntu bweyatundanga enyumba ey'otyamamu mu kibuga ekiriku bugwe, kale yasobolanga okuginunula omwaka ogundi nga gukaali kuwaaku kasookeire etundibwa; yamalanga omwaka omulamba ng'alina obuyinza obw'okununula. 30Era bw'eteenunulirwenga mu ibbanga ery'omwaka omulamba, kale enyumba eri mu kibuga ekiriku bugwe yafuukiranga dala y'oyo eyagigulire okubba eyiye enaku gyonagona, mu mirembe gye gyonagyona: teyabiranga mu jubiri.31Naye enyumba egy'omu byalo ebibulaku bugwe okubyetooloola gyabalirwanga wamu n'enimiro egy'omu byalo: gyasobokanga okununulibwa, era gyayabiranga mu jubiri. 32Naye ebibuga eby'Abaleevi, enyumba egy'omu bibuga eby'obutaka bwabwe, Abaleevi bayingiryanga okuginunula mu biseera byonabona.33Era eimu ku Baleevi bwanunulanga, kale enyumba eyatundiibwe, n'ekibuga eky'obutaka bwe, kyayabiranga mu jubiri: kubanga enyumba egy'omu bibuga eby'Abaleevi niibwo butaka bwabwe mu baana ba Isiraeri. 34Naye enimiro ey'omu byalo ebiriraine ebibuga byabwe tetundibwanga; kubanga niibwo butaka bwabwe olw'enaku gyonagyona.35Era mugande wo bw'abba ng'ayavuwaire, omukono gwe ne guwaamu amaani gy'oli; kale wamuyambanga: yatyamanga naiwe ng'omugeni era ng'omuwanganguse. 36Tomutwalangaku magoba waire ebisukirira; naye otyanga Katonda wo: mugande wo kaisi atyamenga naiwe. 37Tomuwolanga bintu byo lwa magoba, so tomuwanga byokulya byo olw'ebisuukirira. 38Ninze Mukama Katonda wanyu, eyabatoire mu nsi y'e Misiri, okubawa ensi ye Kanani, okubba Katonda wanyu.39Era mugande wo bw'aba ng'ayavuwaliire gy'oli, ne yeetunda gy'oli; tomufuulanga mwidu okukuweereryanga: 40yaabbanga naiwe ng'omusenze akolera empeera era ng'omuwaŋangusi; yakuweereryanga okutuusya ku mwaka gwa jubiri: 41kaisi akuvaaku, iye n'abaana be awamu naye, n'aira mu nda gye iye, no mu butaka bwa baitaaye mweyairiranga.42Kubanga baidu bange, be natoire mu nsi y'e Misiri: tebatundibwanga okubba abaidu. 43Tomufuganga lwa maani; naye otyanga Katonda wo. 44N'abaidu bo, n'abazaana bo, bewabbanga nabo; ku mawanga agabeetooloire, ku abo kwe mwagulanga abaidu n'abazaana.45Era ku baana b'abageni abatyama mu imwe, ku abo kwe mwagulanga no ku ŋande gyabwe egiri naimwe, niibo bazaaliire mu nsi yanyu: boona baabbanga nvuma gyanyu. 46Era mwabafuulanga obusika eri abaana banyu ababaiririranga okubba nabo okubba envuma; ku abo kwe munaatwalanga abaddu banyu enaku gyonagyona: naye bagande banyu abaana ba Isiraeri temubafuganga mwenka na mwekka lwa maani.47Era Omugeni oba muwaŋangusi ali naiwe bw'abba ng'agaigaware, ni mugande wo ng'ayavuwaliire gy'ali, ne yeetunda eri omugeni oba muwagangusi ali naiwe, oba eri olukolo lw'eira gy'omuwaŋangusi: 48bw'eyamalanga okutundibwa yasobolanga okununulibwa; omumu ku bagande be yasobolanga okumununula:49oba kweiza we, oba mutaane wa kweiza we, yasobolanga okumununula; oba omuntu yenayena ku nda gye amuli okumpi mu lugande eyasobolanga okumununula oba bw'abba ng'agaigawaire, yasobolanga okwenunula yenka. 50Era yabonekanga oyo eyamugulire okuva ku mwaka mwe yeetundiire gy'ali okutuusya ku mwaka gwa jubiri: n'omuwendo ogw'okutundibwa kwe gwabbanga ng'omuwendo gw'emyaka bwe gwabbanga; ng'ebiseera eby'omusenzi akolera empeera bwe biri atyo bweyabbanga naye.51Oba ng'ekaali esigaireyo emyaka mingi, ng'egyo bwe giri bweyairyanga atyo ku muwendo ogw'okununulibwa kwe ng'agutoola ku bintu ebyamugulire. 52Era oba ng'ekyasigaireyo emyaka mitono okutuukya ku mwaka gwa jubiri, kale yamubaliranga; ng'emyaka gye bwe giri bweyairyanga atyo omuwendo ogw'okununulibwa kwe.53yabbanga naye ng'omusenzi akolera empeera buli mwaka: tamufuganga lwa maani mu maiso go. 54Era bw'ataanunulibwenga atyo, kale yayabiranga mu mwaka gwa jubiri, iye n'abaana be awamu naye. 55Kubanga abaana ba Isiraeri baidu gye ndi; niibo baidu bange be natoire mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wanyu.
1Temwekoleranga bifaananyi, so temwesimbiranga kifaananyi kyole, waire empagi, so temuteekanga mu nsi yanyu ibbaale lyonalyona eririku enjola, okulivuunamiranga: kubanga ninze Mukama Katonda wanyu. 2Mwekuumanga sabbiiti gyange, ne muteekangamu ekitiibwa awatukuvu wange: ninze Mukama.3Bwe mwatambuliranga mu mateeka gange ne mwekuumanga ebiragiro byange ne mubikola; 4kale nawanga amaizi ganyu mu ntuuko yaago, n'ensi yabbalanga ekyengera kyayo, n'emisaale egy'omu nimiro gyabalanga ebibala byagyo.5N'okuwuula kwanyu kwatuukanga ku kunoga eizabbibu, n'okunoga kwatuukanga ku biseera eby'okusigiramu: era mwalyalyanga emigaati gyanyu okwikuta, ne mutyama mu nsi yanyu mirembe. 6Nzena naawanga emirembe mu nsi, era mwagalamiranga so tewaabbenga eyabatiisyanga: era ndimalawo ensolo embiibbi mu nsi, so n'ekitala tekyabitenga mu nsi yanyu.7Naimwe mwabbinganga abalabe banyu, era baagwanga mu maiso ganyu n'ekitala. 8Era abataanu ku imwe babbinganga ekikumi, n'ekikumi ku imwe babbinganga mutwaalo: n'abalabe banyu banaigwanga mu maaso ganyu n'ekitala.9Era nabateekangaku omwoyo, ne mbazaalisya, ne mbairya; era nanywezanga endagaano yange naimwe. 10Era mwalyanga ku byagisiibwe eira ebyalwire, era mwafulumyanga eby'eira olw'ebiyaka.11Era nateekanga enyumba yange mu imwe: n'obulamu bwange tebwabakyawenga. 12Era natambuliranga mu imwe ne mbaa Katonda wanyu, naimwe mwabbanga bantu bange. 13Ninze Mukama Katonda wanyu eyabatoire mu nsi y'e Misiri, muleke okubba abaidu baabwe; era menye ebisiba eby'ekyeju kyanyu, ne mbatambulirya nga mwesibire.14Naye bwe mutampulirenga ne mutakola biragiro bino byonabona: 15era bwe mwagaananga amateeka gange, n'obulamu bwanyu bwe bwakyawanga emisango gyange, n'obutakola ne mutakolanga biragiro byange byonabona, naye ne muleka endagaanu yange:16Nzeena naabakolanga nti; naalagiranga Entiisya okubba ku imwe, akakono n'omusuuja, ebyabamalangamu amaiso, ne bikoozimbya obulamu: era mwasigiranga busa ensigo gyanyu, kubanga abalabe banyu bagiryanga. 17Era naboolekeryanga amaiso gange, naimwe mwakubbibwanga mu maiso g'abalabe banyu: ababakyawire be niibo babafuganga; era mwairukanga nga wabula abbinga.18Era n'ebyo byonabona bwe byalemwanga okubampulilya, kale ndyeyongera emirundi musanvu okubabonereza olw'ebibbiibi byanyu. 19Era namenyanga amalala ag'obuyinza bwanyu; era nafuulanga eigulu lyanyu okubba ng'ekyma, n'etakali lyanyu okubba ng'ekikomo: 20n'amaani ganyu gayabiranga busa: kubanga ensi yanyu teebalenga kyengera kyayo, so n'emisaale egy'omu nsi tegiibalenga bibala byagyo.21Era bwe mwatambuliranga mu kutongana nanze, ne mutampulira; ndyeyongeranga emirundi musanvu okubaleetaku ebibonyoobonyo ng'ebibbiibi byanyu bwe byabbanga. 22Era naasindikanga mu imwe ensolo ey'omu nsiko, yabanyagangaku abaana banyu, era yazikiriryanga ebisibo byanyu, era yabakendeeryanga; N'amangira ganyu gazikanga:23Era n'ebyo bwe byalemwanga okubairyawo gye ndi, naye ne mutambuliranga mu kutongana nanze; 24kale Nzeena natambuliranga mu kutongana naimwe; era nabakubbanga emirundi musanvu, ninze mwene, olw'ebbiibi byanyu.25Era nabaleetangaku ekitala, ekyawalananga eigwanga ery'endagaanu; era mwakuŋaanyizibwanga wamu mu bibuga byanyu: era nasindikanga kawumpuli ku imwe; era mwagabulwanga mu mukono gw'omulabe. 26Bwe namenyanga omwigo gwanyu ogw'omugaati, Abakali ikumi banaayokyeryanga emigaati gyanyu mu kabiga kamu, era bairyanga ate emigaati gyanyu nga bagipimire mu minzani: era mwalyanga ne mutaikuta.27Era n'ebyo byonabona bwe byalemwanga okubampulirya, naye ne mutambuliranga mu kutingana nanze; 28kale natambuliranga mu kutongana naimwe mu kiruyi; era nababonerezanga emirundi musanvu olw'ebibbiibi byanyu.29Era mwalyanga enyama ya Bataane banyu, n'enyama ya bawala banyu gye mwalyanga. 30Era nazikiriryanga ebifo byanyu ebigulumivu ne nsuulira dala ebifaananyi byanyu eby'eisana, ne nsuula emirambo gyanyu ku mirambo gy'ebifaananyi byanyu; n'obulamu bwange bwabakyawanga.31Era naazisanga ebibuga byanyu, era nafuulanga awatukuvu wanyu malungu, so tinawulirenga lusu lw'akaloosa kanyu. 32Era nafuulanga ensi idungu: n'abalabe banyu abagityamamu bagyewuunyanga. 33Naimwe nabasaasaanyanga mu mawanga, ne nsowola ekitala okubasengererya: n'ensi yanyu yabbanga idungu, n'ebibuga byanyu byazikanga.34Awo ensi kaisi esanyukira sabbiiti gyayo, enaku gyonagona gy'eyazikiranga naimwe nga muli mu nsi y'abalabe banyu; awo ensi kaisi n'ewumula n'esanyukira sabbiiti gyayo. 35Enaku gyonagona gy'eyazikiranga yawumulanga; okuwumula okwo kw'etabbanga nakwo ku sabbiiti gyanyu nga mukaali mulimu. 36N'abo abasigalangawo ku imwe, nasindikanga obutabbaamu mwoyo mu mwoyo gwabwe mu nsi gy'abalabe baabwe: n'eidoboozi ly'akasubi akamenyeka lyababbinganga; era bairukanga ng'omuntu bw'airuka ekitala; era bagwanga nga wabula abbinga.37Era baniinagananga bonka na bonka, ng'abairuka ekitala, nga wabula abbinga: so temwabbenga na maani okuyimirira mu maiso g'abalabe banyu. 38Era mwazikiriranga mu mawanga, n'ensi y'abalabe banyu yabalyanga. 39N'abo abasigalangawo ku imwe bakoozimbiranga mu butali butuukirivu bwabwe mu nsi gy'abalabe banyu; era no mu butali butuukirivu bwa bazeiza baabwe mwe bakoozimbiranga wamu nabo.40Era bayatulanga obutali butuukirivu bwabwe, n'obutali bu tuukirivu bwa bazeiza baabwe, mu kusobya kwabwe kwe bansobyaku, era nga tebaatambula nanze, 41era nga kyenaava ntambulira nzena mu kutongana nabo ne mbaleeta mu nsi y'abalabe baabwe, kubanga batambulira mu kutongana nanze: kale omwoyo gwabwe ogutali mukomole bwe gwatoowazibwanga, kale ne baikirirya okubonerezebwa kw'obutali butuukirivu bwabwe; 42awo kaisi ne njijukira endagaanu yange gye nalagaina no Yakobo; era n'endagaano gye nalagaine ni Isaaka, era n'endagaanu yange gye nalagaine no Ibulayimu nagiijukiranga: era naijukiranga ensi.43Era ensi bagirekanga, n'esanyukira sabbiiti gyayo, ng'ekaali ezikire ibo nga babulamu; era baikiriryanga okubonerezebwa kw'obutali butuukirivu bwabwe: kubanga bagaine emisango gyange, eyo niiyo ensonga, n'obulamu bwabwe ne bukyawa amateeka gange.44Era naye ebyo byonabona nga bimalire okubbaawo, bwe babbanga nga bali mu nsi y'abalabe baabwe, tinabagaanenga, so tinabakyawenga, okubazikiririrya dala, n'okuleka endagaanu yange gye nalagaine nabo: kubanga ninze Mukama Katonda waabwe: 45naye naijukiranga ku lwabwe endagaanu ya bazeiza baabwe, be natoire mu nsi y'e Misiri mu maiso g'amawanga, kaisi mbeenga Katonda waabwe: ninze Mukama.46Ago niigo mateeka n'emisango n'ebiragiro Mukama bye yateekerewo wakati we n'abaana ba Isiraeri ku lusozi Sinaayi n'omukono gwa Musa.
1Mukama n'akoba Musa nti 2Tumula n'abaana ba Isiraeri, obakobe nti Omuntu bweyatuukiriryanga obweyamu, emibiri gyabbanga gya Mukama ng'okubala kwo bwe kwabbanga.3N'okubala kwo okw'omusaiza eyaakamala emyaka abiri okutuukya ku myaka enkaaga, okubala kwo kwabbanga sekeri gya feeza ataanu, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri. 4Era bw'eyabbanga ow'obuwala, kale okubala kwo kwabbanga sekeri asatu.5Era bweyabbanga yaakamala emyaka etaanu okutuukya ku myaka abiri, kale okubala kwo okw'ow'obwisuka kwabbanga sekeri abiri, n'okw'ow'obuwala sekeri ikumi. 6Era bweyabbanga yaakamala mwezi gumu okutuukya ku myaka etaanu, kale okubala kwo okw'ow'obwisuka kwabbanga sekeri gye feeza itaanu, n'okubala kwo okw'ow'obuwala kwabbanga sekeri gye feeza isatu.7Era bw'eyabbanga yaakamala emyaka enkaaga n'okukirawo; bweyabbanga omusaiza, kale okubala kwo kwabbanga sekeri ikumi na itaanu, n'okw'omukali sekeri ikumi. 8Naye bw'eyabbanga omwavu okusinga okubandi ikwo, kale yayemerezebwanga mu maiso ga kabona, kabona n'amusalira omuwendo; ng'obuyinza bw'oyo eyeeyamire bwe bwabbanga, atyo kabona bweyamusaliranga.9Era bweyabbanga ensolo, abantu gye bawaayo okubba ekirabo eri Mukama, byonabona omuntu yenayena byeyawangayo ku egyo eri Mukama byabbanga bitukuvu. 10Tagikyusyanga so tagiwaanyisyanga, ekisa mu kifo ky'ekibiibi, oba ekibbiibi mu kifo ky'ekisa: n'okuwaanyisya bweyawaanyisyanga ensolo n'ensolo, kale eyo era n'edi eizire mu kifo kyayo gyombiri gyabbanga ntukuvu.11Era bweyabbanga ensolo yonnayona eteri nongoofu, gye batawaayo okubba ekitone eri Mukama, awo yayemereeryanga ensolo mu maiso ga kabona: 12kale kabona yagiramulanga, oba nga nsa oba nga mbibbi: nga iwe kabona bwewagiramulanga, bweyabbanga etyo. 13Naye okununula bweyatakalanga okuginunula, kale yagaitangaku ekitundu kyayo eky'okutaanu ku bintu by'olamwire.14Era omuntu bweyatukulyanga enyumba ye okubba entukuvu eri Mukama, kale kabona yagiramulanga, oba nga nsa oba nga mbibbi: nga kabona bweyagiramulanga, bweyabbanga etyo. 15Era oyo eyagitukwirye bweyagalanga okununula enyumba ye, kale yagaitangaku ekitundu eky'okutaanu eky'ebintu by'olamwire, n'ebba yiye.16Era omuntu bweyatukulyanga eri Mukama ekitundu ky'enimiro y'obutaka bwe, kale okulamula kwo kwabbanga ng'okusigibwa kwayo bwe kwabbanga okusiga kwa komeri ogwa sayiri kwalamulwanga sekeri egye feeza ataanu.17Bweyatukulyanga enimiro ye okuva ku mwaka gwa jubiri, yabbanga ng'okulamula kwo bwe kwabbanga. 18Naye bweyatukulyanga enimiro ye jubiri nga guweireku, kale kabona yamubaliranga ebintu ng'emyaka bwe giri egikaali gisigaireyo okutuukya ku mwaka gwa jubiri, ne bakenderya ku bintu bye walamwire.19N'okununula oyo eyatukwirye enimiro bweyatakanga okuginunula, kale yagaitangaku ekitundu eky'okutaanu eky'ebintu bye walamwire, n'efuukira dala yiye. 20Era bw'ataatakenga kununula nimiro, oba bw'aba ng'agulirye enimiro ogondi, tekyanunulibwanga ate; 21naye enimiro bweyayabiranga mu jubiri, yabbanga ntukuvu eri Mukama, ng'enimiro eyawongeibwe; yabbanga ya kabona ye nvuma.22Era yatukulyanga eri Mukama enimiro gye yagulire, eteri yo mu nimiro yo butaka bwe; 23kale kabona yamubaliranga omuwendo gw'ebintu bye walamula okutuukya ku mwaka gwa jubiri: era yawanga ebintu bye walamwire ku lunaku olwo, ng'ekintu ekitukuvu eri Mukama.24Mu mwaka gwa jubiri enimiro yairanga eri oyo eyagitundire, niiye mwene wo butaka obw'enimiro. 25N'okulamula kwo kwonakwona kwabbanga nga sekeri bw'eri ey'omu watukuvu: gera abiri gyabbanga sekeri.26Wabula egula enda mu nsolo, ebba eya Mukama egula enda, tewabbangawo eyagitukulyanga; oba nga nte, oba nga ntama, eba ya Mukama. 27Era bweyabbanga yo ku nsolo eteri nongoofu, kale yaginunulanga ng'okulamula kwo bwe kwabbanga, n'agaitaku ekitundu kyaku eky'okutaanu: oba bw'eteenunulibwenga, kale yatundibwanga ng'okulamula kwo bwe kwabbanga.28Naye tewabbanga kiatu ekyawongeibwe, omuntu ky'eyawongeranga Mukama ku byonabona by'alina, oba nga muntu oba nga nsolo, oba nga nimiro yo butaka bwe, ekyatundibwanga oba ekyanunulibwanga: buli kintu ekyawongebwa kibba kitukuvu inu eri Mukama. 29Tewabbanga eyawongeibwe, eyawongebwanga ku bantu, eyanunulibwanga; talemanga kwitibwa.30Era ebitundu byonabona eby'eikumi eby'ensi, oba nga bye nsigo gye nsi, oba nga bye bibala bye musaale, bya Mukama: bibba bitukuvu eri Mukama. 31Era omuntu bweyatakanga okununula ku bitundu bye eby'eikumi, agaitangaku ekitundu kyabyo eky'okutaanu.32Era ebitundu byonabona eby'eikumi eby'ente oba eby'entama, buli ebita wansi w'omwigo, ebitundu eby'eikumi byabbanga bitukuvu eri Mukama. 33Takeberanga oba nga nsa oba nga mbibbi so tagiwaanyisyanga: n'okuwaanyisya bweyagiwaanyisyanga, kale eyo era n'edi eizire mu kifo kyayo gyombiri gyabbanga ntukuvu: tenunulibwanga.34Ebyo niibyo biragiro, Mukama bye yalagiire Musa olw'abaana ba Isiraeri ku lusozi Sinaayi.
1Awo wabbairewo omusaiza ow'e Lamasaimuzofimu, eky'o mu nsi ey'e nsozi eya Efulayimu, eriina lye Erukaana, mutaane wa Yerokamu, mutaane wa Eriku, mutaane wa Toku, mutaane wa Zufu, Omwefulayimu: 2era yabbaire n'a bakali babiri; omumu eriina lye nga niiye Kaana, n'o gondi eriina lye nga niiye Penina: era Penina yabbaire n'a baana, naye Kaana tiyabbaire n'a baana.3Awo omusaiza oyo yavanga mu kyalo kye buli mwaka n'a niina okusinza n'o kuweerayo mu Siiro sadaaka eri Mukama ow'e igye. N'a bataane ba Eri bombiri, Kofuni n'o Finekaasi, bakabona eri Mukama, babbaire eyo. 4Awo olunaku bwe lwatuukire Erukaana kwe yaweereireyo sadaaka, n'awa emigabo Penina mukali we n'a bataane be na bawala be:5naye n'awa Kaana emigabo ibiri: kubanga yamutakire Kaana, naye Mukama yabbaire aigaire ekida kye. 6Mwalikwa we n'a musunguwalya inu okumweraliikirirya, kubanga Mukama yabbaire agaire ekida kye.7Awo musaiza we bwe yakolanga atyo buli mwaka, iye bwe yaniinanga okwaba mu nyumba ya Mukama, n'a musunguwalya atyo; kyeyaviire akunga amaliga n'agaana okulya. 8Awo Erukaana musaiza we n'a mukoba nti Kaana, okungira ki? kiki ekikulobera okulya? n'o mwoyo gwo kiki ekigweraliikirirya? nze tinsinga abaana eikumi gy'oli obusa?9Awo Kaana n'a golokoka nga bamalire okulya mu Siiro, era nga bamalire okunywa. Awo Eri kabona yabbaire ng'atyaime ku ntebe ye awaali omufuubeeto ogw'o mu yeekaalu ya Mukama. 10N'o mwoyo gwe gwabbaire nga gumuluma, n'asaba Mukama, n'akunga inu amaliga.11Ne yeeyama obweyamu n'atumula nti "Ai Mukama ow'e igye, bw'olibba ng'oniingiriire enaku omuzaana wo gy'aboine, n'o njijukira n'oteerabira muzaana wo, naye n'owa omuzaana wo omwana ow'o bwisuka, awo ndimuwa Mukama enaku gyonagyona egy'o bulamu bwe, so n'a kamwanu tekalibita ku mutwe gwe".12Awo olwatuukire, bwe yeeyongeire okusaba mu maiso ga Mukama, Eri ni yekaanya omunwa gwe. 13Era Kaana yatumwire mu mwoyo gwe; emumwa gwe gwatoobeire, naye eidoboozi lye tiryawulikikire. Eri kyeyaviire alowooza nti atamiire. 14Eri n'amukoba nti olituukya waina okutamiiranga? wetooleku omwenge gwo.15Kaana n'a iramu n'atumula nti Bbe, mukama wange, nze ndi mukali alina omwoyo ogunakuwaire: tinyire mwenge waire ekitamiirya, naye nfukire ebiri mu meeme yange mu maiso ga Mukama. 16Toyeta muzaana wo muwala wa Beriali: kubanga mu kwemulugunya kwange okusukiriire n'o mu kunyiiga kwange mwe nyemere okutumula okutuusya atyanu.17Awo Eri n'a iramu n’atumula nti yaba mirembe: era Katonda wa Isiraeri akuwe ebyo by'o musabire. 18N'atumula nti omuzaana wo abone ekisa mu maiso go. Awo omukali ni yeirirayo, n'alya, amaiso ge ne gatatokooterera lwo kubiri.19Awo ni bagolokoka Amakeeri mu makeeri, ni basinza mu maiso ga Mukama ni bairayo eika, ne batuuka mu nyumba yaabwe mu Laama: Erukaana n'a manya Kaana mukali we; Mukama n'a mwijukira. 20Awo olwatuukire ebiseera bwe byatuukire Kaana n'abba ekida nazaala omwana w'o bwisuka; n'a mutuuma eriina lye Samwiri, nti Kubanga namusabire eri Mukama.21Omusaiza Erukaana n'e nyumba ye yonayona ni baniina okuwaayo sadaaka eya buli mwaka eri Mukama n'o bweyamu bwe. 22Naye Kaana n'ataniina; kubanga Yakobere ibaye nti tinjaba kuniinayo okutuusya omwana lw'aliva ku mabeere, kaisi ni mutwala aboneke mu maiso ga Mukama, abbenga eyo enaku gyonagyona. 23Erukaana ibaye n'amukoba nti kola nga bw'osiima; bba awo okutuusya lw'olimala okumutoola ku mabeere; kyooka Mukama anywezye ekigambo kye. Awo omukali n'abba awo n'ayonkya omwana okutuusya lwe yamutoire ku mabeere.24Awo bwe yamalire okumutoola ku mabeere, n'a mutwala n'ayaba naye n'a niina, ng'alina ente isatu, ne efa imu ey'o bwita, n'e kideku eky'omwenge, n'a mutwala mu nyumba ya Mukama mu Siiro: era omwana yabbaire mutomuto. 25Ne baita ente ne baleetera Eri omwana.26N'amukoba nti Ai mukama wange, nga bw'oli omulamu, mukama wange, nze ndi mukali oyo eyayemereire w'oli wano, nga nsaba Mukama. 27Omwana ono gwe nasabire; era Mukama yampaire ebyo bye namusabire; 28nzena kyenviire muwaayo eri Mukama; ng'akaali mulamu aweweibweyo eri Mukama. iye n'asinziza Mukama eyo.
1Kaana n'asaba n'atumula nti omwoyo gwange gujaguzirya Mukama, eiziga lyange ligulumizibwa mu Mukama: omunwa gwange gugaziwire ku balabe bange; Kubanga nsanyukira obulokozi bwo.2Wabula mutukuvu nga Mukama; Kubanga wabula gondi wabula iwe: So wabula lwazi oluli sooti Katonda waisu3Timutumulanga ate bye kyeju kingi ekyenkaniire awo; Eby'a malala tibivanga mu munwa gwanyu: Kubanga Mukama Katonda w'o kumanya, n'oyo niiye apima ebikolwa. 4Emitego egy'a bazira gimenyekere. N'abo abeesitalanga beesibire amaani.5Abaikutanga bapakasirye olw'e mere; n'abo abalumwanga enjala bakomere niiwo awo, omugumba azaire musanvu; n'oyo alina abaana abangi ayongobera.6Mukama aita n'alamya: aserengetya mu magombe n'aniinisya okuvaayo. 7Mukama ayavuwalya era agaigawalya: Aikya wansi, era niiye agulumirya.8Ayimusya abaavu okubatoola mu nfuufu, Asitula abeetaaga okubatoola mu lubungo, Okubatyamisya awamu n'abalangira, Basikire entebe ey'e kitiibwa: Kubanga empango gy'e nsi gya Mukama, Era yateekere ebintu byonabona okwo.9Alikuuma ebigere by'a batukuvu be, naye ababbiibi balisirikibwa mu ndikirirya; kubanga tiwalibba muntu alisinga olw'a maani.10Abawakana n'o Mukama balimenyekamenyeka; alibwatuka ku ibo ng'ayema mu igulu: Mukama alisala omusango gw'e nkomerero gy'e nsi; Era alimuwa kabaka we amaani, n'agulumirya oyo gwe yafukireku amafuta.11Awo Erukaana n'ayaba e Lama mu nyumba ye. Omwana n'aweererya Mukama mu maiso ga Eri kabona.12Awo bataane ba Eri babbaire baana ba Beriali; tibaamaite Mukama. 13N'empisa bakabona gye babityanga eri abantu yabbaire eti; omuntu yenayena bwe yawangayo sadaaka, omwidu wa kabona n'aiza, nga bakaali bafumba enyama, ng'alina eikato ery'a mainu masatu mu ngalo gye; 14n'akisoya mu nsaka oba bbinika oba ntamu oba sefuliya; byonabona eikato bye lyaleetanga kabona n'a bitwalanga n'eryo. Batyo bwe baakoleranga mu Siiro Abaisiraeri bonabona abaizangayo.15Niiwo awo, nga bakaali kwokya masavu, omwidu wa kabona n'aizanga, n'akoba omusaiza eyabbaire awaayo sadaaka nti mpa enyama okwokyerya kabona; kubanga tiyatakire omuwe enyama enfumbe wabula embisi. 16N'o musaiza bwe yamukobanga nti tibaaleke kwokya masavu mangu ago, kaisi n'otwala ng'e meeme yo bw'e yatakire; awo n'atumulanga nti Bbe, naye wagimpa atyanu: era bw'e wagaana, n'agitwala lwa maani. 17Ekibbiibi eky'a baisuka abo ne kibba kinene inu mu maiso ga Mukama: kubanga abantu ni batamwa ekiweebwayo eri Mukama.18Naye Samwiri n'a weererezanga mu maiso ga Mukama, nga mwana mutomuto nga yeesibire ekanzo eya bafuta. 19Era maye n'amutungiranga akanagiro n'akamuleeteranga buli mwaka, bwe yaniinanga awamu n'o ibaye okuwaayo sadaaka eya buli mwaka.20Eri n'a musabira omukisa Erukaana n'o mukali we, n'atumula nti Mukama akuwe eizaire mu mukali ono olw'ekyo kye yayazikire Mukama. Ni bairayo ewaabwe eika. 21Awo Mukama n'aizira Kaana n'abba kida n'azaala abaana ab'obwisuka basatu n'a b'o buwala babiri. Omwana Samwiri n'akulira mu maiso ga Mukama.22Awo Eri yabbaire akairikire inu; n'awulira byonabona bataane be bye baakolanga Abaisiraeri bonabona era bwe bagonanga n'abakali abaaweerereryanga ku mulyango gw'e weema ey'o kusisinkanirangamu. 23N'abakoba nti kiki ekibakozesya ebifaanana bityo? kubanga abantu bano bonabona bankobera ebikolwa byanyu ebibbibi. 24Bbe, baana bange; kubanga bye mpulira ti bisa n'akadiidiiri: mwonoonesya eigwanga lya Mukama.25Omuntu bw'asobya ku mwinaye, Katonda alimusalira omusango: naye omuntu bw'asobya ku Mukama, alimwegayiririra yani? Naye ni batawulira idoboozi lya itawabwe, kubanga Mukama yabbaire ataka okubaita. 26Omwana Samwiri ni yeeyongera okukula, n'abba muganzi wa Katonda era n'a bantu.27Awo ni waiza omusaiza wa Katonda eri Eri, n'a mukoba nti Atyo bw'atumula Mukama nti Neebikuliire ekika kya itaawo, bwe babbaire mu Misiri nga basibiibwe mu nyumba ya Falaawo? 28Era namutoola mu bika byonabona ebya Isiraeri ni mulonda okubba kabona wange, n'o kuniinanga ku kyoto kyange, okwoteryanga obubaani, okuvalanga ekanzo mu maiso gange? ni mpa ekika kya itaawo ebiweebwayo byonabona eby'a baana ba Isiraeri ebikolebwa n'o musyo?29Lwaki imwe okusambira sadaaka yange n'e kiweebwayo gye ndi, bye nalagiire mu nyumba yange, n'oteekamu ekitiibwa bataane bo okusinga nze, imwe okwesavuwalya n'ebisinga obusa mu ebyo byonabona Isiraeri abantu bange bye bawaayo? 30Mukama, Katonda wa Isiraeri, kyava atumula nti Okutumula natumula ng'e kika kyo n'e kika kya itaawo kyatambuliranga mu maiso gange enaku gyonagyona: naye atyanu Mukama atumula nti kiirire edi; kubanga abo abanteekamu ekitiibwa benateekangamu ekitiibwa, n'abo abanyooma tibabatengamu k'o buntu.31Bona, enaku giiza, lwe ndisalaku omukono gwo n'o mukono gw'e nyumba ya itaawo, waleke okubba omukaire mu nyumba yo. 32Era oliringirira enyumba yange ng'e bonyaabonyezebwa mu bisa byonabona Katonda by'aliwa Isiraeri: so tewaabenga mukaire mu nyumba yo enaku gyonagyona. 33N'o musaiza wo gwe ntazikiriryenga okumutoola ku kyoto kyange yabbanga wa kumalawo amaiso go n'okunakuwalya omwoyo gwo: n'e izaire lyonalyona ery'e nyumba yo bafanga nga baakaiza bavubuke.34Era kano niiko kalibba akabonero gy'oli akalituuka ku bataane bo bombiri, Kofini n'o Finekaasi; bombiri balifa ku lunaku lumu. 35Nzeena ndyeyimusirya kabona omwesigwa eyakolanga ng'ebyo bwe biri ebiri mu mwoyo gwange n'o mu meeme yange: era ndimuzimbira enyumba eyenkalakalira; era yatambuliranga enaku gyonagyona mu maiso g'oyo gwe ndifukaku amafuta.36Awo olulituukire, buli alisigala mu nyumba yo aliiza n’amuvuunamira olw'e kitundu ky'e feeza n'o mugaati gumu, n'atumula nti mpa obumu ku bwami bwa bakabona, nkwegayiriire, kaisi ndye ku kamere.
1Awo omwana Samwiri n'aweerereryanga Mukama mu maiso ga Eri. N'e kigambo kya Mukama kyabbaire ky'o muwendo mungi mu naku egyo; tiwaabbaagawo kwolesebwa kw'o lwatu. 2Awo olwatuukire mu biseera ebyo, Eri ng'a galamiire mu kifo kye, (n’a maiso ge gabbaire gatandikire okuyimbaala n'atasobola kubona,) 3n'e tabaaza ya Katonda nga kaali kulikira, n'o Samwiri ng'a galamiire okugona mu yeekaalu ya Mukama omwabbaire sanduuku ya Katonda; 4awo Mukama n'ayeta Samwiri: n'atumula nti ninze ono.5N'airuka mbiro n'aiza eri Eri n'atumula nti ninze ono; kubanga onjetere. N'atumula nti timkwetere; galamira ate. N'ayaba, n'agalamira. 6Mukama n'amweta ate olw'okubiri nti Samwiri. Samwiri n’a golokoka n'ayaba eri Eri n'atumula nti ninze ono; kubanga onjetere. N'airamu nti tinkwetere, mwana wange; galamira ate.7Era Samwiri yabbaire akaali kumanya Mukama, so n'e kigambo kya Mukama kyabbaire kikaali kumubiikulirwa. 8Mukama n'ayeta Samwiri ate omulundi ogw'okusatu. N'agolokoka n'ayaba eri Eri n'atumula nti ninze ono; kubanga onjetere. Awo Eri n'ategeera nga Mukama niiye ayetere omwana.9Eri kyeyaviire akoba Samwiri nti yaba ogalamirire: awo olwatuukire, bweyabba ng'akwetere, n'otumula nti Tumula, Mukama wange; kubanga omwidu wo awulira. Awo Samwiri n’ayaba n'agalamira mu kifo kye.10Mukama n'aiza n'ayemerera n'ayeta ng'olundi nti Samwiri, Samwiri. Awo Samwiri n'atumula nti Tumula; kubanga omwidu wo awulira. 11Mukama n'akoba Samwiri nti bona, ndikola ekigambo mu Isiraeri ekiryamirirya amatu gombiri aga buli muntu alikiwulira.12Ku lunaku olwo ndituukirirya ku Eri byonabyona bye naakatumula ku nyumba ye, okuva ku luberyeberye okutuusya ku nkomeraro. 13Kubanga namukobere nga ndisalira enyumba ye omusango ogw'e naku gyonagyona, olw'o butali butuukirivu bwe yamaite, kubanga bataane be beereetaku ekiraamo, iye n'atabaziyiza. 14Kyenviire ndayirira enyumba ya Eri ng'obutali butuukirivu obw'enyumba ya Eri tebwaba kulongoosebwa n'e sadaaka waire ebiweebwayo enaku gyonagyona.15Samwiri n'agalamira n'akyeesya obwire, kaisi n'aigulawo enjigi gy'e nyumba ya Mukama. Samwiri n'atya okukobera Eri bye yayoleseibwe. 16Awo Eri n'ayeta Samwiri n'atumula nti Samwiri, mwana wange. N'atumula nti ninze ono.17N'atumula nti kigambo ki Mukama ky'akukobere? nkwegayiriire, tokingisa: Katonda akukole atyo n'o kusingawo, bwewangisa ekigambo kyonakyona ku ebyo Byonabyona by'akukobere. 18Awo Samwiri n'amukobera buli kigambo n'atamugisa kigambo kyonakona. N'atumula nti niiye Mukama: akole nga bw'asiima.19Samwiri n'akula, Mukama n'abba naye, n'ataganya bigambo bye kugwa wansi n'e kimu. 20Abaisiraeri bonabona okuva eri Daani okutuuka e Beeruseba ne bamanya nga Samwiri ateekeibwewo okubba nabbi wa Mukama. 21Mukama n'abonekera ate mu Siiro: kubanga Mukama yeebikuliire Samwiri mu Siiro n'e kigambo kya Mukama.
1Ekigambo kya Samwiri ni kiizira Israeri yenayena. Awo Abaisiraeri ni batabaala okulwana n'Abafirisuuti ni basiisira ku mbali kwa Ebenezeri: Abafirisuuti ni basiisira mu Afeki. 2Abafirisuuti ne basimba enyiriri okulwana n'Abaisiraeri: awo bwe baatuukagaineku, Isiraeri n'akubbibwa mu maiso g'Abafirisuuti: ni baitira awo ku igye lyabwe abasaiza ng'e nkumi ina.3Awo abantu bwe baatuukire mu lusiisira, Abakaire ba Isiraeri ni batumula nti Mukama atukubbiire ki watynu mu maiso g'Abafirisuuti? Tusyome esanduuku ey'endagaanu ya Mukama nga tugitoola mu Siiro tugireete we tuli, etuuke mu ife etulokole mu mukono gw'abalabe baisu. 4Awo abantu ni batuma e Siiro, ni batoolayo esanduuku ey'e ndagaanu ya Mukama ow'e igye, atyama ku bakerubi: na bataane ba Eri bombiri Kofuni n'o Finekaasi babbaire eyo awali esanduuku ey'e ndagaanu ya Katonda.5Awo esanduuku ey'e ndagaani ya Mukama bwe yatuukire mu lusiisira, Abaisiraeri bonabona ni batumulira waigulu n'e idoboozi inene n'okuwuuma ensi n’e wuumira dala. 6Awo Abafirisuuti bwe baawuliire eidoboozi ery'okutumulira waigulu, ni batumula nti eidoboozi eryo lye batumulira waigulu einu mu lusiisira lw'Abaebbulaniya amakulu gaalyo ki? Ne bategeera ng'e sanduuku ya Mukama etuukire mu lusiisira.7Awo Abafirisuuti ni batya kubanga batumwire nti Katonda atuukire mu lusiisira. Ni batumula nti gitusangire! kubanga obw'e ira tiwabbangawo kigambo ekifaanana kityo. 8Gitusangire! yani alitulokola mu mukono gwa bakatonda abo ab'a maani? Niibo bakatonda abo abaabonyazabonyerye Abamisiri mu idungu n'e bibonyoobonyo ebitali bimu. 9Mwiremu amaani, mwerage obusaiza, imwe Abafirisuuti, muleke okubba abaidu b'Abaebbulaniya, nga ibo bwe baabbanga abanyu: mwerage obusaiza, mulwane.10Awo Abafirisuuti ni balwana, Isiraeri n'akubbibwa, ni bairukira buli muntu mu weema ye: ni wabba oluta lunene inu; kubanga ku baisiraeri ni kugwa abasaiza abatambwire n'e bigere emitwaalo isatu. 11Sanduuku ya Mukama n’enyagibwa; bataane ba Eri bombiri Kofuni no Finekaasi ni baitibwa.12Omusaiza wa Benyamini n’ava mu igye n'airuka n'atuuka e Siiro ku lunaku olwo, engoye gye nga gikanukire n'e itakali nga liri ku mutwe gwe. 13Awo bwe yaizire, bona, Eri ng'atyaime ku ntebe ye ku mbali kw'e ngira ng'a lingirira: kubanga omwoyo gwe gwabbaire gutengerera sanduuku ya Katonda. Awo omusaiza bwe yatuukire mu kibuga n'akikobera, ekibuga kyonakyona ni kitumulira waigulu.14Awo Eri bwe yawuliire eidoboozi ery'o kutumulira waigulu, n'atumula nti eidoboozi ery'o luyoogaano luno amakulu gaalyo ki? Omusaiza n'ayanguwa n'aiza n'akobera Eri. 15Era Eri yabbaire nga yaakamala emyaka kyenda mu munaana; n'a maiso ge gabbaire gayimbaire n'atasobola kubona.16Omusaiza n'akoba Eri nti ninze oyo eyaviire mu igye, ni ngiruka watynu okuva mu igye. N'atumula nti byabbaire bitya, mwana wange? 17Awo oyo eyaleetere ebigambo n'airamu n'atumula nti Abaisiraeri bairukire mu maiso g'Abafirisuuti, era wabbairewo oluta olunene mu bantu, era na bataane bo bombiri Kofuni no Finekaasi bafiire, ne sanduuku ya Katonda enyagiibwe.18Awo olwatuukire bwe yatumwire ku sanduuku ya Katonda, n'agwa bugazi okuva ku ntebe ye ku mbali kw'o mulyango, eikoti rye ni bukutukaku n'afa: kubanga yabbaire mukaire n'o buzito muzito. Era yabbaire alamuliire Isiraeri emyaka ana.19Awo muko mwana we, mukali wa Finekaasi, yabbaire kida ng'ali kumpi okuzaala: awo bwe yawuliire ebigambo ng'e sanduuku ya Katonda enyagiibwe, era nga sezaala we n'o ibaye bafiire, n'akutama n'a zaala: kubanga obulumi bwe bwamutuukireku. 20Awo ng'ali kumpi okufa Abakali abemereire wadi ne bamukoba nti totya; kubanga ozaire omwana w'o bwisuka. Naye n'atairamu so teyateekereyo mwoyo.21N'atuuma omwana Ikabodi ng'atumula nti Ekitiibwa kiviire ku Isiraeri: kubanga sanduuku ya Katonda enyagiibwe, n'o kulwa sezaala we no ibaye 22N'atumula nti Ekitiibwa kiviire ku Isiraeri; kubanga sanduuku ya Katonda enyagiibwa
1Awo Ababrisuuti babbaire banyagire esanduuku ya Katonda, ni bagitoola e Ebenezeri ni bagitwala e Asudodi. 2Abafirisuuti ni bairira esanduuku ya Katonda ni bagireeta mu isabo lya Dagoni ne bagiteeka ku mbali kwa Dagoni. 3Abasudodi bwe bagolokokere amakeeri mu makeeri, bona, Dagoni ng'a gwire amaiso ge nga gali wansi mu maiso ge sanduuku ya Mukama. Ni bairira Dagoni ni bamubulya ate mu kifo kye.4Awo bwe bagolokokere olw'o kubiri amakeeri mu makeeri, bona, Dagoni ng'atyaime amaiso ge nga gali wansi mu maiso ge saaduuku ya Mukama; n'o mutwe gwa Dagoni n'ebibatu byombiri eby'e mikono gye nga bitemeibweku nga bigalamiire mu mulyango; ekiwuduwudu kya Dagoni niikyo kyamusigaliirewo kyonka. 5Bakabona ba Dagoni kyebaaviire baleka okuniina ku mulyango gwa Dagoni mu Asudodi na buli kasaale, waire omuntu yenayena ayingira mu nyumba ya Dagoni.6Naye omukono gwa Mukama ni gubazitoowerera Abasudodi, n'abazikirirya, n'abalwalya ebizimba, Asudodi era n'e nsalo gyakyo. 7Awo Abasudodi bwe baboine nga kyabbaire kityo, ni batumula nti esanduuku ya Katonda wa Isiraeri teribba naife: kubanga omukono gwe gutuluma ne Dagoni Katonda waisu.8Awo ni batuma ni bakuŋaanya gye babbaire abaami bonabona ab'Abafirisuuti ne batumula nti twakola tutya esanduuku ya Katonda wa Isiraeri? Ni bairamu nti esaaduuku ya Katonda wa Isiraeri etambuzibwe okutuusya e Gaasi. Ne batambulya esanduuku ya Katonda wa Isiraeri. 9Awo olwatuukire, bwe bamalire okugitambulya, omukono gwa Mukama ni gulwana n'e kibuga ni gubakeŋentererya inu dala: n'alwalya ab'o mu kibuga, abatobato n'a bakulu, ebizimba ne bifuutuuka ku ibo.10Awo ne baweererya esanduuku ya Katonda okwaba e Ekuloni. Awo olwatuukire, esanduuko ya Katonda bwe yatuukire e Ekuloni, Abaekuloni ni batumulira waigulu nga batumula nti batambwirye esaaduuku ya Katonda wa Isiraeri ne bagituukya gye tuli, okutwita n'a bantu baisu.11Awo ne batuma ne bakuŋaanya abaami bonabona ab'Abafirisuuti ni batumula nti musindike esanduuku ya Katonda wa Isiraeri, eireyo mu kifo kyayo, ereke okutwita n'a bantu baisu: kubanga okukeŋenterera okw'o kufa kwabunire ekibuga kyonakyona; omukono gwa Katonda gwazitowere inu eyo. 12N'abo abataafiire ne balwala ebizimba: okukunga kw'e kibuga ni kuniina mu igulu.
1Awo esanduuku ya Mukama yamalire emyezi musanvu ng'eri mu nsi ey'Abafirisuuti. 2Awo Abafirisuuti ni beeta bakabona n'a bafumu, nga batumula nti twakola tutya esanduuku ya Mukama? tutegeezye bwe tubba tugiweererya okwaba mu kifo kyayo.3Ni batumula nti bwe mwasindika esanduuku ya Katonda wa Isiraeri okwaba, timugisindika njereere; naye timuleka kumuweererya ekiweebwayo olw'o musango: kaisi ni muwona, era kiritegeerwa imwe ekiroberya okubatoolaku omukono gwe. 4Awo ni batumula nti Ekiweebwayo olw'o musango niikyo kye tulimuweererya kiribba ki? Ni batumula nti ebizimba ebye zaabu bitaanu n'e misonso egy'e zaabu itaanu, ng'abaami b'Abafirisuuti bwe bekankana omuwendo: kubanga ekibonyoobonyo ekimu kyabbaire ku imwe mwenamwena n'o ku baami banyu.5Kyemwavuire mwekolera ebifaananyi by'ebizimba byanyu n'e bifaananyi by'e misonso gyanyu egyonoona ensi; era muliwa ekitiibwa Katonda wa Isiraeri: koizi alitoola omukono gwe ku imwe n'o ku bakatonda banyu n'o ku nsi yanyu. 6Kale mukakanyaliirye ki emyoyo gyanyu? nga Abamisiri n'o Falaawo bwe baakakanyairye emyoyo gyabwe? bwe yamalire okukola mu ibo eby'e kitalo, tebaikiriirye bantu kwaba nibaaba?7Kale atyanu mwirire egaali enjaka mugyeteekereteekere, n'e nte ibiri egiramulwa, egitateekebwangaku jooko, musibe ente ku gaali, mugitooleku enyana gyagyo mugiirye eika: 8mwirire esanduuku ya Mukama, mugiteeke ku gaali; muteeke ebintu ebye zaabu, bye mumuweererya okubba ekiweebwayo olw'o musango, mu bbweta ku mbali gaayo; mugisindike eyabe. 9Awo mutegeere, bw'eryambukira mu ngira ey'e nsalo yaayo okwaba e Besusemesi, awo nga niiye yatukolere ekibbiibi kino ekinene: naye bwe kitalibba kityo, awo tulitegeera ng'o mukono gwe ti niigwo gwatukubbire; kyatugwiirire bugwiri.10Abasaiza ni bakola batyo; ni bairira ente ibiri egiramulwa, ni bagisiba ku gaali, ni basiba enyana gyagyo eika. 11ne bateeka esanduuku ya Mukama ku gaali, n'ebbweta erimu emisonso egy'e zaabu n'e bifaananyi by'e bizimba byabwe. 12Awo ente ne gikwata engira engolokofu eira e Besusemesi, gyabitire mu luguudo, nga gikunga nga gyaba, ne gitakyama ku mukono omulyo waire ku mugooda; abaami b'Abafirisuuti ni bagigoberera okutuusya ku nsalo eye Besusemesi.13N'Ababesusemesi babbaire nga bakungula eŋaanu Yaabwe mu kiwonvu: ni bayimusya amaiso gaabwe ni babona esanduuku ni basanyuka okugibona.14Egaali n'eiza mu nimiro ya Yoswa Omubesusemesi n'eyemerera eyo, awaali eibbaale einene: ni bateeka emisaale egy'e gaali, ni bawaayo ente egyo okubba ekiweebwayo ekyokyebwa eri Mukama. 15Awo Abaleevi ni bateeka esanduuku ya Mukama n'ebbweta eyabbaire nayo omwabbaire ebintu eby'e zaabu, ni babiteeka ku ibbaale eryo einene: Ababesusemesi ni bawaayo ebiweebwayo ebyokyebwa ni basala sadaaka ku lunaku olwo eri Mukama.16N'a baami abataano ab'Abafirisuuti bwe baakiboine, ni bairayo e Ekuloni ku lunaku olwo.17N'ebizimba eby'e zaabu Abafirisuuti bye baaweereirye Mukama okubba ekiweebwayo olw'o musango niibyo bino: ekye Asudodi kimu, ekye Gaza kimu, ekye Asukulooni kimu, ekye Gaasi kimu, ekye Ekuloni kimu; 18n'emisonso egye zaabu ng'ebibuga byonabyona eby'Abafirisuuti eby'a baami abataanu bwe byekankana omuwendo, ebibuga ebiriku enkomera era n'e mbuga egy'o mu byalo: okutuusya ku ibbaale eryo einene, kwe bateekere sanduuku ya Mukama, eririwo na guno gwiza mu nimiro ya Yoswa Omubesusemesi.19N'aita ku Babesusemesi, kubanga babbaire balingizirye mu sanduuku ya Mukama, n'a ita iye ku bantu Abasaiza emitwaalo itaanu mu nsanvu: abantu ni banakuwala, kubanga Mukama yaitire abantu olwita olunene. 20Ababesusemesi ni batumula nti yani asobola okwemerera mu maiso ga Mukama Katonda ono omutukuvu? era eri ani gy'aliniina ng'atuviireku?21Ni batumira abo abaatyama mu Kiriyasuyalimu ababaka, nga batumula nti Abafirisuuti bayiriryewo esanduuku ya Mukama; muserengete imwe, mugisyome eniine gye muli.
1Awo Abakiriyasuyalimu ni baiza ne bairukira esanduuku ya Mukama, ni bagireeta mu nyumba ya Abinadaabu ku lusozi, ni batukulya Eriyazaali mutaane we okukuumanga esanduuku ya Mukama. 2Awo olwatuukire okuva ku lunaku esanduuku bwe yabbaire mu Kiriyasuyalimu, ni wabbaawo ekiseera kinene; kubanga gyabbaire emyaka abiri n'e nyumba ya Isiraeri yonayona ni basagira Mukama nga banakuwala.3Awo Samwiri n'akoba enyumba ya Isiraeri yonayona nti oba nga mwirawo eri Mukama n'o mwoyo gwanyu gwonagwona, kale mutoolewo bakatonda abageni n'a Baasutaloosi bave mu imwe, muteekereteekere Mukama emyoyo gyanyu, mumuweererye yenka: yeena alibalokola mu mukono gw'Abafirisuuti. 4Awo abaana ba Isiraeri kaisi ni batoolawo Babaali n'a Baasutaloosi, ni baweererya Mukama yenka.5Awo Samwiri n'atumula nti Mukuŋaanye Isiraeri yenayena baize e Mizupa, nzena ndibasabira eri Mukama. 6Ne bakuŋaanira e Mizupa, ni basena amaizi, ni bagafuka mu maiso ga Mukama, ni basiiba ku lunaku olwo, ni batumulira eyo nti Twasoberye ku Mukama. Samwiri n'alamulira abaana ba Isiraeri e Mizupa.7Awo Abafirisuuti bwe bawuliire ng'a baana ba Isiraeri bakuŋaine e Mizupa, abaami b'Abafirisuuti ni batabaala Isiraeri. N'a baana ba Isiraeri bwe baakiwuliire ni batya Abafirisuuti. 8Abaana ba Isiraeri ni bakoba Samwiri nti toleka kukungira Mukama Katonda waisu ku lwaisu atulokole mu mukono gw'Abafirisuuti.9Awo Samwiri n'airira omwana gw'e ntama ogunyonka n’a guwaayo okubba ekiweebwayo ekyokyebwa ekiramba eri Mukama: Samwiri n'akungira Mukama ku lwa Isiraeri: Mukama n'a mwiramu.10Awo Samwiri ng'a waayo ekiweebwayo ekyokyebwa, Abafirisuuti ni basembera okulwana n'e Isiraeri: naye Mukama n'a bwatuka okubwatuka okunene ku lunaku olwo ku Bafirisuuti n'abakeŋentererya; ni bamegebwa wansi mu maiso ga Isiraeri. 11Abasaiza ba Isiraeri ni bava mu Mizupa ni basengererya Abafirisuuti ni babaita okutuusya lwe batuukire ku Besukali.12Awo Samwiri n'a irira eibbaale, n'alisimba wakati w'e Mizupa n'e Seni, n'alituuma eriina lyalyo Ebenezeri, ng'atumula nti Okutuusya watyanu Mukama atubbereire.13Abafirisuuti ni bajeemululwa batyo, ni batatuuka lwo kubiri mu nsalo ya Isiraeri: n'o mukono gwa Mukama gwalwaine n'Abafirisuuti enaku gyonagyona egya Samwiri. 14N'ebibuga Abafirisuuti bye babbaire batoire ku Isiraeri ni biiribwa eri Isiraeri okuva ku Ekuloni okutuusya ku Gaasi; n’e nsalo yaabyo Isiraeri n’a gitoola mu mukono gw'Abafirisuuti. N'e Isiraeri n'Abamoli ni babba n'e mirembe.15Samwiri n’alamulira Isiraeri enaku gyonagyona egy'o bulamu bwe. 16Ni yeetooloolanga buli mwaka n'ayaba e Beseri ne Girugaali ne Mizupa; n'a lamulira Isiraeri mu bifo ebyo byonabyona. 17N'airangayo e Laama kubanga niiyo yabbaire enyumba ye; n’alamulira eyo Isiraeri: n'a zimba eyo ekyoto eri Mukama.
1Awo olwatuukire, Samwiri ng'a kairikire, n'afuula Bataane be abalamuli ba Isiraeri. 2N'o mubereberye eriina lye Yoweeri; n'o w'okubiri eriina lye Abiya: babbaire balamuli mu Beeruseba. 3Bataane be ni batatambulira mu mangira ge, naye ni bakyama okusengererya ebintu, ni balya enguzi, ni balya ensonga.4Awo abakaire ba Isiraeri bonabona kaisi ni ni bakuŋaana ni baiza eri Samwiri e Laama: 5ni bamukoba nti bona, iwe oli mukaire, n'a bataane bo tebatambulira mu mangira go: kale tukolere kabaka atulamulenga ng'a mawanga gonagona.6Naye ekigambo ekyo ni kinyiizya Samwiri, bwe batumwire nti tuwe kabaka atulamulenga. Samwiri n'a saba Mukama. 7Mukama n'a koba Samwiri nti wulira eidoboozi ly'a bantu mu byonabyona bye bakukoba: kubanga ti bakugaine iwe, naye bagaine ninze, ndeke okubba kabaka waabwe.8Ng'e mirimu gyonagoyna bwe giri gye baakakola okuva ku lunaku lwe nabatoire mu Misiri okutuusya atyanu, kubanga bandeka ni baweererya bakatonda abandi, weena bwe bakukolere batyo. 9Kale atyanu wulira eidoboozi lyabwe: naye wabategeezerya dala n'o balaga kabaka bw'alifaanana alibafuga.10Awo Samwiri n'akobera abantu abamusabire kabaka ebigambo bya Mukama Byonabyona. 11N'atumula nti Ati bw'alifaanana kabaka alibafuga: alitwala bataane banyu n'abeewandiikira olw'a magaali ge era okubba abasaiza be abeebagala embalaasi; awo bairukiranga mu maiso g'a magaali ge: 12era alibeewandiikira okubba abaami b'e nkumi n’a baami b'ataano; era aliteekawo abamu okulima ensi ye n'o kukungula ebikungulwa bye, n'o kuweesya ebintu bye eby'o kulwanisya n'e bintu eby'o mu magaali ge.13Era alitwala bawala banyu okufumbanga eby'akaloosa era okubba abafumbiro era okubba abasiiki. 14Era alitwala enimiro gyanyu n'e nsuku gyanyu egy'e mizabibu n'e gy'e mizeyituuni, egisinga obusa, n'agiwa abaidu be. 15Era alitwala ekitundu eky'eikumi eky'e nsigo gyanyu n'e ky'e nsuku gyanyu egy'e mizabibu n'agabira abaami be n'abaidu be.16Era alitwala abaidu banyu n'abazaana banyu n'abaisuka banyu abasinga obusa n'e ndogoyi gyanyu n'a bakozesya emirimu gye. 17Alitwala ekitundu eky'e ikumi eky'e ntama gyanyu: era mulibba baidu be. 18Era mulikunga ku lunaku olwo olwa kabaka wanyu gwe mulibba mwerondeire; so Mukama talibairiramu ku lunaku olwo.19Naye abantu ni bagaana okuwulira eidoboozi lya Samwiri; ne batumula nti bbe; naye tutaka kabaka atufuge; 20feena tufaanane ng'a mawanga gonagona; kabaka waisu atusalirenga emisango, atabaalenga ng'atutangiire atulwanirirenga entalo gyaisu.21Samwiri n'awulira ebigambo byonabyona eby'a bantu, n'a bitumula mu matu ga Mukama. 22Awo Mukama n'akoba Samwiri nti Wulira eidoboozi lyabwe obakolere kabaka. Samwiri n'akoba abasaiza ba Isiraeri nti mwireyo buli muntu mu kibuga ky'e waabwe.
1Awo wabbairewo omusaiza wa Benyamini, eriina lye Kiisi, mutaane wa Abiyeeri, mutaane wa Zeroli, mutaane wa Bekolaasi, mutaane wa Afia omwana w'Omubenyamini, omusaiza ow'a maanni omuzira. 2Era yabbaire n'o mwana, eriina lye Sawulo, omwisuka omusa: so mu baana ba Isiraeri ti mwabbaire muntu eyamusingire obusa: Okuva ku bibega bye n'o kwambuka yasingire abantu bonabona obuwanvu.3Awo endogoyi gya Kiisi itaaye wa Sawulo gyabbaire gigotere. Kiisi n'akoba Sawulo mutaane we nti Twala omumu ku baidu ayabe naiwe ogolokoke oyabe osagiire endogoyi. 4Awo n'abita mu nsi ey'e nsozi eya Efulayimu n’abita n'o mu nsi ya Salisa, naye ni batagibona: awo ni babita mu nsi y'e Saalimu, nga gibulayo: n'abita mu nsi ey'Ababenyamini, naye ni bataginona.5Awo bwe baatuukire mu nsi y'e Zufu, Sawulo n'akoba omwidu we eyabbaire naye nti twabe twireyo; itawange aleke okuleka okulowooza endogoyi ni yeeraliikirira ife. 6N'a mukoba nti bona, mu kibuga muno mulimu omusaiza wa Katonda, era omusaiza oyo bamuteekamu ekitiibwa; byonabyona by'atumula tibirema kutuukirira: twabe eyo atyanu; Koizi iye yasobola okutukobera eby'o lugendo lwaisu lwe tutambula.7Awo Sawulo n'akoba omwidu we nti naye, bona, bwe twayaba kiki kye twamutwalira omusaiza? kubanga emere eweire mu bintu byaisu, so wabula kirabo kye tubba tutwalira omusaiza wa Katonda tulina ki? 8Omwidu n'a mwiramu Sawulo ate n'atumula nti Bona, nina ekitundu eky'okuna ekye sekeri eye feeza mu ngalo gyange: ekyo kye naawa omusaiza wa Katonda atulagirire engira yaisu.9(Eira mu Isiraeri, omuntu bwe yayabanga okubuulya Katonda, n'atumulanga ati nti iza twabe eri omuboni: kubanga oyo ayetebwa nabbi atyanu bamwetanga muboni eira.) 10Awo Sawulo n'akoba omwidu we nti otumwire kusa; Iza twabe. Awo ni bayingira mu kibuga omwabbaire omusaiza wa Katonda. 11Awo bwe babbaire baniina awayambukirwa mu kibuga, ni basanga abawala abatobato nga bafuluma okusena amaizi, ni babakoba nti omuboni ali wano?12Ne babairamu ni batumula nti aliwo; bona, ali mu maiso go: yanguwa, kubanga atuukire mu kibuga atyanu; kubanga abantu balina sadaaka watyanu mu kifo ekigulumivu: 13bwe mwabba nga mutuukire mu kibuga, mwamubona mangu ago, ng'akaali kwambuka mu kifo ekigulumivu okulya: kubanga abantu tibaalye ng'akaali kwiza, kubanga niiye asabira sadaaka omukisa; awo abayeteibwe kaisi ni balya. Kale atyanu mwambuke; kubanga atyanu lwe mwamubona.14Ne bambuka mu kibuga; awo bwe babbaire bayingira mu kibuga, bona, Samwiri n'afuluma okuboolekera, okwambuka mu kifo ekigulumivu.15Awo Mukama yabbaire abiikuliire Samwiri ng'ekaali esigaireyo olunaku lumu Sawulo okwiza, ng'atumula nti 16Amakeeri nga mu kiseera kino nawererya gy'oli omusaiza ava mu nsi y'e Benyamini, era olimufukaku amafuta okubba omukulu w'a bantu bange Isiraeri, era niiye alirokola abantu bange mu mukono gw'Abafirisuuti: kubanga ningiriire abantu bange, kubanga okukunga kwabwe kutuukire gye ndi.17Awo Samwiri bwe yaboine Sawulo, Mukama n'amukoba nti bona omusaiza gwe nakukobereku! oyo niiye alibba n'o buyinza ku bantu bange. 18Awo Sawulo n'asemberera Samwiri mu mulyango n'atumula nti nkobera, nkwegayiriire, enyumba ey'o muboni w'eri. 19Samwiri n'airamu Sawulo n'gatumula nti ninze muboni; yambuka okuntangira mu kifo ekigulumivu, kubanga mwalya nanze watyanu: awo amakeeri naakuseebula, ni nkukobera byonabyona ebiri mu mwoyo gwo.20N'e ndogoyi gyo egyakamala enaku eisatu okugota, togyeraliikirira; kubanga gibonekere. Era byonabyona ebyegombebwa mu Isiraeri biribba by'ani? tibiribba bibyo iwe n'e nyumba ya itaawo yonayona? 21Sawulo n'airamu n'atumula nti nze tindi Mubenyamini, ow'o mu kika ekisinga obutono mu bika bya Isiraeri? n'e nyumba yange ti niiyo esinga obutono mu nyumba gyonagyona egy'e kika kya Benyamini? kale kiki ekikutumulya nanze otyo?22Awo Samwiri n'atwala Sawulo n'omwidu we n'abayingirya mu nyumba ey'a bageni n'abatyamisya mu kifo eky'o ku mwanjo mu abo abayeteibwe, abantu ng'asatu.23Samwiri n'akoba omufumbiro nti Leeta omugabo gwe nkuwaire gwe nkukobereku nti Gugise. 24Omufumbiro n'asitula ekisambi n'ebyakibbaireku n'akiteeka mu maiso ga Sawulo. Samwiri n'atumula nti bona ekyo ekigisiibwe! kiteeke mu maiso go olye; kubanga kikugisisiibwe okutuusya ku biseera ebyateekeibwawo, kubanga natumwire nti njetere abantu. Awo Sawulo n'alya n'o Samwiri ku lunaku olwo.25Awo bwe babbaire baserengetere mu kibuga okuva mu kifo ekigulumivu, n'ateesya n'o Sawulo waigulu ku nyumba. 26Ne bagolokoka mu makeeri: awo olwatuukire obwire nga bukya, Samwiri n'ayeta Sawulo waigulu ku nyumba ng'atumula nti Golokoka, nkusindike oyabe. Sawulo n'agolokoka ni bafuluma bombiri, iye n'o Samwiri.27Bwe babbaire nga baserengeta ekibuga we kikoma, Samwiri n'akoba Sawulo nti lagira omwidu abitemu atutangire (n'abitamu,) naye iwe yemerera bwemereri mu kiseera kino nkuwulirye ekigambo kya Katonda.
1Awo Samwiri n'airira ecupa y'amafuta n'agafuka ku mutwe gwe n'amunywegera n'atumula nti Mukama ti niiye akufukireku amafuta okubba omukulu w'o busika bwe? 2Bwewava gye ndi watyanu, wabona abasaiza babiri ku magombe ga Laakeeri, mu nsalo y'e Benyamini e Zereza; awo bakukoba nti endogoyi gye wayabire okusagira gibonekere: era, bona, itaawo alekereyo okulowooza endogoyi ni yeeraliikirira iwe ng'atumula nti nakola ntya olw'omwana wange?3Awo wavaayo ni weeyongera okwaba mu maiso n'otuuka awali omwera gwa Taboli, wasiŋaanwa eyo abasaiza basatu nga bambuka eri Katonda e Beseri, omumu ng'atwala abaana b'e mbuli basatu, n'o gondi ng'atwala emigaati isatu, n'ogondi ng'atwala ekideku eky'o mwenge: 4awo bakusugirya ni bakuwa emigaati ibiri: gy'obba otoola mu ngalo gyabwe.5Kaisi n'otuuka ku lusozi lwa Katonda awali ekigo eky'Abafirisuuti: awo olwatuuka, bwewabba ng'otuukire eyo mu kibuga, wasiŋaana ekibiina kya banabbi nga baserengeta nga bava mu kifo ekigulumivu nga balina ekongo n'ebitaasa n'endere n'e nanga nga bibatangiire; era baabba nga balagula: 6awo omwoyo gwa Mukama gwaiza ku iwe n'a maani, n'o lagulira wamu nabo, n'ofuuka okubba omuntu ogondi.7Awo olwatuuka, obubonero obwo nga bukutuukireku, okolanga ng'o mukono gwo bwe gwasanga bwe biri; kubanga Katonda ali naiwe. 8Era watangira n'o serengeta e Girugaali; nzena, bona, ndiserengeta gy'oli, okuwaayo ebiweebwayo ebyokyebwa n'o kusala sadaaka egy'e biweebwayo olw'e mirembe: olimalayo enaku musanvu kaisi ngize gy'oli nkutegeeze by'obba okola.9Awo olwatuukire bwe yakyusirye amabega ge okuva Samwiri w'ali, Katonda n'amuwa omwoyo ogundi: obubonero obwo bwonabwona ni butuukirira ku lunaku olwo. 10Awo bwe batunkireyo eri olusozi, bona, ekibiina kya banabbi ni kisisinkana naye; omwoyo gwa Mukama ni gwiza ku iye n'a maani, n'a lagula mu ibo.11Awo olwatuukire bonabona abaamumanyanga eira bwe bamuboine, bona, ng'alagulira wamu na banabbi, awo abantu nga bakobagana nti kiki kino ekimwiziriire mutaane wa Kiisi? n'o Sawulo ali mu banabbi? 12Awo omuntu ow'o mu kifo omwo n'airamu n'atumula nti N'o itaaye niiye ani? Kyewaviire lufuuka olugero nti n'o Sawulo ali mu banabbi? 13Awo bwe yamalire okulagula n'aiza mu kifo ekigulumivu.14Awo kweiza wa Sawulo n'a mukoba iye n'omwidu we nti mwayabire waina? Natumula nti Okusagira endogoyi: awo bwe twaboine nga tigibonekere ni twiza eri Samwiri. 15Kwiza wa Sawulo n'atumula nti nkobera, nkwegayiriire, Samwiri bye yabakobere. 16Sawulo n'akoba koizawe nti yatubuuliriire dala ng'e ndogoyi gibonekere. Naye ebigambo eby'obwakabaka, Samwiri bye yatumwire, teyabimukobeireku.17Samwiri n'ayeta abantu n'abakuŋaanyirya eri Mukama e Mizupa; 18n'akoba atyo abaana ba Isiraeri nti atyo bw'atumula Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti natoire Isiraeri mu Misiri ne mbalokola mu mukono gw'Abamisiri n'o mu mukono gw'o bwakabaka bwonabwona obwabajooganga: 19naye watynu mugaine Katonda wanyu, abalokola mwene mu naku gyanyu gyonagyona n'o bwinike bwanyu; era mumukobere nti bbe naye teekawo kabaka atufuge. Kale atyanu mweyanjule mu maiso ga Mukama ng'ebika byanyu bwe biri; era ng'e nkumi gyanyu bwe giri.20Awo Samwiri n'a semberya ebika byonabyona ebya Isiraeri; ekika kya Benyamini ni kitwalibwa. 21N'asemberya ekika kya Benyamini ng'e nyumba gyabwe bwe gyabbaire, enyumba ey'Abamateri n'etwalibwa: Sawulo mutaane wa Kiisi n'atwalibwa; naye bwe bamusagiire, ne batasobola kumubona.22Awo ne beeyongera okubuulya Mukama nti Ekyasigaireyo omusaiza ow'o kwiza eno? Mukama n'a iramu nti bona, yegisire mu bintu. 23Ni bairuka mbiro ne bamutoolayo; awo bwe yayemereire mu bantu, ng'asinga abantu bonabona obuwanvu okuva ku bibega bye n'o kwambuka.24Awo Samwiri n'a koba abantu bonabona nti Muboine oyo Mukama gw'alondere, nga wabula amwekankana mu Bantu bonabona? Abantu bonabona ne batumulira waigulu ni batumula nti Kabaka abbe omulamu.25Awo Samwiri kaisi n'akobera abantu obwakabaka bwe bulifaanana, n'abiwandiika mu kitabo n'akigisa mu maiso ga Mukama. Samwiri n'asindika abantu bonabona baabe buli muntu mu nyumba ye.26N'o Sawulo yeena n'ayaba mu nyumba e Gibea; ni waaba naye eigye Katonda be yabbaire akomereku ku myoyo gyabwe. 27Naye ne wabbaawo abaana ba Beriali abatumwire nti omusaiza oyo alitulokola atya? Ni bamunyooma ni batamuleetera kirabo. Naye iye n'a sirika.
1Awo olwatuukire Sawulo ng'a malire okufa, Dawudi ng'airirewo ng'a malire okwita Abamaleki, era Dawudi ng'amalire enaku biri e Zikulagi: 2awo olwatuukire ku lunaku olw'o kusatu, bona, omusaiza n'ava mu lusiisira eri Sawulo ng'a kanwire ebivaalo bye n'eitakali nga liri ku mutwe gwe: awo olwatuukire bwe yaizire eri Dawudi, n'avuunama ni yeeyanzya.3Dawudi n'a mukoba nti Ova waina? N'amukoba nti Mponere mu lusiisira lwa Isiraeri. 4Dawudi n'a mukoba nti byabbaire bitya? Nkwegayiriire, nkobera. N'airamu nti Abantu bairukire mu lutalo, era n'a bantu bangi bagwire bafiire; n'o Sawulo n'o Yonasaani mutaane we bafiire boona. 5Dawudi n'akoba omwisuka eyamukobeire nti omanyira ku ki nga Sawulo n'o Yonasaani mutaane we bafiire?6Omwisuka eyamukobeire n'a tumula nti bwe nabbaire ndi awo ku lusozi Girubowa, bona, Sawulo ni yeesigika ku isimu lye; awo, bona, amagaali n'a beebagala embalaasi ni bamucoca. 7Awo bwe yakebukire, n'a mbona n'a njeta. Ni ngiramu nti Ninze ono.8N'ankoba nti niiwe ani? Ne mwiramu nti nze ndi Mwamaleki. 9N'ankoba nti Nkwegayiriire, yemerera ku mbali kwange ongite, kubanga obubalagali bunkwaite; kubanga obulamu bwange bukaali bulamu mu nze. 10Awo ne nyemerera ku mbali kwe, ni mwita, kubanga nategeereire dala nga tasobola kubba omulamu ng'amalire okugwa: ne ntwala engule eyabbaire ku mutwe gwe n'e kikomo ekyabbaire ku mukono gwe, era mbireetere wano eri mukama wange.11Awo Dawudi n'akwata engoye gye n'agikanula; era batyo abasaiza bonabona Ababbaire naye: 12ni bawuubaala ni bakunga amaliga ne basiiba ne bazibya obwire, olwa Sawulo n'olwa Yonasaani mutaane we n'o lw'a bantu ba Mukama n'o lw'e nyumba ya Isiraeri; kubanga bagwire n'e kitala. 13Dawudi n'a koba omwisuka eyamukobeire nti oli wa waina? N'a iramu nti Ndi mwana wa munaigwanga, Omwamaleki.14Dawudi n'a mukoba nti kiki ekyakulobeire okutya okugolola omukono gwo okuzikirirya oyo Mukama gwe yafukireku amafuta? 15Dawudi n'ayeta omumu ku baisuka n'a tumula nti Sembera omugweku. N'a musumita n'afa. 16Dawudi n'amukoba nti Omusaayi gwo gubbe ku mutwe gwo; kubanga omunwa gwo niiye mujulizi gy'oli ng'otumula nti ngitire oyo Mukama gwe yafukireku amafuta.17Awo Dawudi n'a kungubagira Sawulo n'o Yonasaani mutaane we okukungubaga kuno: 18n'alagira okwegeresya abaana ba Yuda (olwembo) olw'o mutego: bona, lwa wandiikiibwe mu kitabo kya Yasali. 19Ekitiibwa kyo, ai Isiraeri, kiitiibwe ku bifo byo ebigulumivu. Ab'a maani nga bagwire! 20Ti mukikoberenga mu Gaasi, ti mukyatulanga mu nguudo gya Asukulooni; Abawala b'Abafirisuuti baleke okusanyuka, Abawala b'a batali bakomole baleke okujaguza.21Imwe ensozi gya Girubowa, ku imwe kuleke okubaaku omusulo waire amaizi, waire ensuku egy'e biweebwayo: Kubanga eyo engabo ey'a b'a maani gye yasuuliibwe obubbiibi, engabo ya Sawulo, ng'a taafukiibweku mafuta. 22Omutego gwa Yonasaani tegwakyukanga nyuma okuva ku musaayi gw'a baitibwe, ku masavu g'a b'a maani, n'e kitala kya Sawulo ti kyairangawo nga kyereere.23Sawulo n'o Yonasaani babbaire basa era b'o kusanyusya mu bulamu bwabwe, n'o mu kufa kwabwe tebayawuliibwe; Babbaire be mbiro okusinga eikookoma, babbaire ba maani okusinga empologoma. 24Imwe abawala ba Isiraeri, mukungire Sawulo, Eyabavaalisirye engoye egitwakaala egy'o kwesiima, eyayonjere ebivaalo byanyu n'e zaabu.25Ab'a maani nga bagwire wakati mu lutalo! Yonasaani aitiibwe ku bifo byo ebigulumivu. 26Nkunakuwaliire, mugande wange Yonasaani: Wansanyusyanga inu dala: Okutaka kwo gye ndi kwabbaire kwe kitalo, nga kusinga okutaka kw'a bakali. 27Ab'a maani nga bagwire, n'e byokulwanyisya nga bizikiriire!
1Awo olwatuukire oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'a buulya Mukama ng'a tumula nti nyambuke mu kyonakyona ku bibuga bya Yuda? Mukama n'a mukoba nti yambuka. Dawudi n'a tumula nti na yambuka waina? N'atumula nti e Kebbulooni. 2Awo Dawudi n'a yambukayo, era na bakali be bombiri, Akinoamu Omuyezuleeri n'a Abbigayiri mukali wa Nabali Omukalumeeri. 3N'a basaiza be abaali naye n'a bambukya, buli muntu n'a b'o mu nyumba ye: ni babba mu bibuga eby'o mu Kebbulooni.4Awo abasaiza ba Yuda ni baiza, ni bafukira eyo amafuta ku Dawudi okubba kabaka w'e nyumba ya Yuda. Ni bamukobera Dawudi nti ab'e Yabesugireyaadi niibo baaziikire Sawulo. 5Awo Dawudi n'atumira ab'e Yabesugireyaadi ababaka n'a bakoba nti muweebwe Mukama omukisa, kubanga mwalagire mukama wanyu ekisa kino, niiye Sawulo, ni mu muziika.6Era Mukama abalagenga ekisa n'a mazima: nzena ndibasasula ekisa kino, kubanga mwakolere ekigambo kino. 7Kale emikono gyanyu gibbe n'a maani, era mubbe bazira: kubanga Sawulo mukama wanyu afiire, era enyumba ya Yuda banfukireku amafuta okubba kabaka waabwe.8Era Abuneeri Mutaane wa Neeri, omukulu w'e igye lya Sawulo, yabbaire atwaire Isubosesi mutaane wa Sawulo, n'a musomokya n'a mutwala e Makanayimu; 9n'a mufuula kabaka w'e Gireyaadi era ow'Abasuuli era ow'e Yezuleeri era owe Efulayimu era owe Benyamini era owa Isiraeri yenayena.10(Isubosesi Mutaane wa Sawulo yabbaire yaakamala emyaka ana bwe yatandikire okufuga Isiraeri, n'afugira emyaka ibiri.) Naye enyumba ya Yuda ni basengererya Dawudi. 11N'e biseera Dawudi bye yamalire nga niiye kabaka w'e nyumba ya Yuda mu Kebbulooni byabbaire myaka musanvu ne emyezi mukaaga.12Awo Abuneeri Mutaane wa Neeri n'a baidu ba Isubosesi mutaane wa Sawulo ni bava e Makanayimu ni baaba e Gibyoni. 13Yowaabu mutaane wa Zeruyiya n'a baidu ba Dawudi ni bafuluma ni basisinkana nabo ku kidiba eky'e Gibyoni; ni batyama, bano emitala w'eno w'e kidiba, na babbaire emitala w'edi w'e kidiba.14Awo Abuneeri n'a koba Yowaabu nti nkwegayiriire, abaisuka bagolokoke bazanyire mu maiso gaisu. Yowaabu n'a tumula nti bagolokoke. 15Awo ni bagolokoka ni basomoka nga babaliibwe; aba Benyamini n'o Isubosesi mutaane wa Sawulo ikumi na babiri, n'o ku baidu ba Dawudi ikumi na babiri.16Ni bakwata buli muntu mwinaye omutwe, ni basumita buli muntu olumpete lwa mwinaye n'e kitala; awo ne bagwira wamu: ekifo ekyo kyekyaviire kyetebwa Kerukasukazulimu, ekiri mu Gibyoni. 17Olutalo ne lubba lukakanyavu inu ku lunaku olwo; Abuneeri n'abbingibwa n'a basaiza ba Isiraeri mu maiso g'a baidu ba Dawudi.18Era bataane ba Zeruyiya bonsatu babbaire eyo, Yowaabu n'o Abisaayi n'o Asakeri: era Asakeri yabbaire w'e mbiro ng'e mpuuli ey'o mu itale. 19Asakeri n'a sengererya Abuneeri; awo ng'a yaba nga takyama ku mukono omulyo waire ku mulyo okugoberera Abuneeri.20Awo Abuneeri n'a kebuka n'a tumula nti Asakeri, niiwe oyo? N'airamu nti Ninze ono. 21Awo Abuneeri n'a mukoba nti kyama ku mukono gwo omulyo oba ku mugooda, okwate omumu ku baisuka weetwalire ebyokulwanisya bye. Naye Asakeri n'a taikirirya kukyama obutamusererya.22Awo Abuneeri n'a koba Asakeri ate nti kyama obutansengererya: kiki ekyabba kikunkubbisya wansi? awo ndimuyimusirya ntya amaiso gange Yowaabu mugande wo? 23Naye n'a gaana okukyama: Abuneeri kyeyaviire amusumita ekida n'o muwunda gw'e isimu, eisimu ni libitamu ni liigukira enyuma we; n'agwira awo n'afiira mu kifo omwo: awo olwatuukire abo bonabona abaatuukire mu kifo Asakeri we yagwire n'afa ni beemerera.24Naye Yowaabu n'Abisaayi ne basengererya Abuneeri: awo eisana n'e rigwa nga batuukire ku lusozi Ama, oluli mu maiso g'e Giya mu ngira ey'e idungu ey'e Gibyoni. 25Awo abaana ba Benyamini ni bakuŋaanira ku Abuneeri, ne bafuuka ekibiina kimu, ne bemerera ku ntiiko y'o lusozi.26Awo Abuneeri n'a koowoola Yowaabu n'a tumula nti ekitala kirirya enaku gyonagyona? tomaite nga walibbaawo obubalagali ku nkomerero ey'o luvannyuma? kale olituusya waina obutalagira bantu kwirayo obutasengererya bagande baabwe? 27Yowaabu n'a tumula nti Katonda nga bw'ali omulamu, singa totumwire, kale amakeeri abantu tebandiremere kwaba, so tebandisengereirye buli muntu mugande we.28Awo Yowaabu n'a fuuwa eikondeere abantu bonabona ni beemerera, so tebeeyongeire kusengererya Isiraeri, so tebalwaine ate lwo kubiri. 29Awo Abuneeri n'a basaiza be ni batambula mu Alaba ni bakyeesya obwire; ne basomoka Yoludaani, ni babita mu Bisulooni yonayona ni baiza e Makanayimu.30Awo Yowaabu n'a irayo ng'a letere okusengererya Abuneeri: awo bwe yakuŋaanyirye abantu bonabona, ku baidu ba Dawudi nga kugotereku abasaiza ikumi na mwenda n'o Asakeri. 31Naye abaidu ba Dawudi babbaire basumitire batyo ku Benyamini n'a basaiza ba Abuneeri n'o kufa ni wafa abasaiza bisatu mu nkaaga. 32Ni basitula Asakeri ni bamuziika mu magombe ga itaaye eyabbaire mu Besirekemu. Yowaabu n'a basaiza be ni batambula ni bakyesya obwire, ne bubakyererera e Kebbulooni.
1Awo ni wabbangawo entalo nyingi eri enyumba ya Sawulo n'e nyumba ya Dawudi: Dawudi ni yeeyongerayongeranga okubba n'a maani, naye enyumba ya Sawulo ni yeeyongerayongeranga okubba enafu.2Awo Dawudi n'azaalirwa abaana ab'o bwisuka e Kebbulooni: n'o mubereberye yabbaire Amunoni, owa Akinoamu Omuyezuleeri; 3n'o w'okubiri Kireyaabu, owa Abbigayiri mukali wa Nabali Omukalumeeri; n'o w'o kusatu Abusaalomu mutaane wa Maaka muwala wa Talumaayi kabaka w'e Gesuli;4n'o w'o kuna Adoniya Mutaane wa Kagisi; n'o w'o kutaanu Sefatiya Mutaane wa Abitali; 5n'o w'o mukaaga Isuleyamu, owa Egula mukali wa Dawudi. Abo niibo baazaaliirwe Dawudi e Kebbulooni.6Awo olwatuukire entalo nga gikaali giriwo eri enyumba ya Sawulo n'e nyumba ya Dawudi, Abuneeri ni yeefuula ow'a maani mu nyumba ya Sawulo. 7Era Sawulo yabbaire n'o muzaana, eriina lye Lizupa, muwala wa Aya: (Isubosesi) n'a koba Abuneeri nti Kiki ekikuyingiirye eri omuzaana wa itawange?8Awo ebigambo bya Isubosesi ni bisunguwalya inu Abuneeri, n'a tumula nti Ninze mutwe gw'e mbwa ogwa Yuda? Watynu ndaga ekisa enyumba ya Sawulo itaawo, bagande be, ne mikwanu gye, ni ntakuwaayo mu mukono gwa Dawudi, era naye onangire omusango ogw'o mukali oyo.9Katonda akole atyo Abuneeri n'o kusingawo, bwe ntalikolera dala Dawudi nga Mukama bwe yamulayiriire; 10okututoola obwakabaka ku nyumba ya Sawulo, n'okusimba entebe ya Dawudi okufuga Isiraeri ne Yuda, okuva ku Daani okutuuka e Beeruseba. 11N'atasobola kumwiramu Abuneeri kigambo kindi, kubanga yamutiire.12Awo Abuneeri n'a tumira Dawudi ababaka ku bubwe iye, ng'a tumula nti mwene we nsi niiye ani? era nti Lagaana nanze, era, bona, omukono gwange gulibba naiwe okukukyukirya Isiraeri yenayena. 13N'atumula nti Kale; ndiragaana naiwe: naye waliwo ekimu kye nkuteekaku nga tolibona maiso gange, bw'otolimala kuleeta Mikali muwala wa Sawulo, bw'oliiza okubona amaiso gange.14Awo Dawudi n'atumira Isubosesi mutaane wa Sawulo ababaka ng'atumula nti mpa mukali wange Mikali gwe nayogerezerye n'e bikuta ekikumi eby'Abafirisuuti. 15Awo Isubosesi n'atuma n'a mutoola ku ibaaye, niiye Palutieri mutaane wa Layisi. 16Ibaaye n'a yaba naye ng'a yaba ng'a kunga, n'a musengererya e Bakulimu. Awo Abuneeri n'a mukoba nti yaba oireyo: n'airayo.17Awo Abuneeri n'ateesya n'a bakaire ba Isiraeri ng'a tumula nti mu biseera eby'e ira mwatakire Dawudi okubba kabaka wanyu: 18kale watyanu mukikole: kubanga Mukama yatumwire ku Dawudi nti mu mukono gw'o mwidu wange Dawudi bwe ndirokola abantu bange Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti n'o mu mukono gw'a balabe baabwe bonabona.19Abuneeri n'a tumula n'o mu matu ga Benyamini: era Abuneeri n'a yaba okutumula n'o mu matu ga Dawudi e Kebbulooni byonabyona Isiraeri n'e nyumba yonayona eye Benyamini bye baasiimire. 20Awo Abuneeri n'aiza eri Dawudi e Kebbulooni n'abasaiza abiri wamu naye. Dawudi n'afumbira embaga Abuneeri n'a basaiza ababbaire naye.21Awo Abuneeri n'a koba Dawudi nti nagolokoka ne njaba ne nkuŋaanya Isiraeri yenayena eri mukama wange kabaka, balagaane endagaanu naiwe, era ofuge bonabyona emeeme yo be yeegomba. Dawudi n'a sindika Abuneeri n'ayaba mirembe.22Awo, bona, abaidu ba Dawudi n'o Yowaabu ni bairawo okukwekweta, ne baleeta nabo omunyago omungi: naye Abuneeri teyabbaire n'o Dawudi e Kebbulooni; kubanga yabbaire amusindikire, yeena ng'ayabire mirembe. 23Awo Yowaabu n'e igye lyonalyona eryabbaire naye bwe batuukire, ne bakobera Yowaabu nti Abuneeri mutaane wa Neeri yaizire eri kabaka, era yamusindikire, era yayabire mirembe.24Awo Yowaabu n'aiza eri kabaka n'a tumula nti Okolere ki? Bona, Abuneeri yaizire gy'oli; wamusindikiire ki, era ayabiire ddala? 25Omaite Abuneeri mutaane wa Neeri ng'a izire okukubeeya n'o kumanya bw'o fuluma n'o yingira n'okumanya byonabyona by'o kola: 26Awo Yowaabu bwe yafulumire okuva eri Dawudi, n'a tuma ababaka okusengererya Abuneeri, ni bamwiryawo okuva ku nsulo ye Siira: naye Dawudi n'atakimanya.27Awo Abuneeri bwe yairirewo e Kebbulooni, Yowaabu n'a mwawulamu n'a mutwala mu mulyango wakati okutumula naye mu kyama, n'a musumitira eyo ekida, n'afa, olw'o musaayi gwa Asakeri mugande we.28Awo oluvannyuma Dawudi bwe yakiwuliire n'atumula nti nze n'o bwakabaka bwange tubulaku musango mu maiso ga Mukama enaku gyonagyona ogw'o musaayi gwa Abuneeri mutaane wa Neeri: 29gugwe ku mutwe gwa Yowaabu n'o ku nyumba yonayona eya itaaye; so mu nyumba ya Yowaabu temugotanga muziku oba mugenge oba eyeesigika ku mwigo oba agwa n'e kitala oba abulwa emere. 30Batyo Yowaabu n'o Abisaayi mugande we bwe baitire Abuneeri, kubanga yabbaire aitire mugande wabwe Asakeri e Gibyoni mu lutalo.31Awo Dawudi n'akoba Yowaabu n'a bantu bonabona ababbaire naye nti muyungire engoye gyanyu mwesibe ebibukutu mukunge mu maiso ga Abuneeri. Kabaka Dawudi n'a sengererya olunyu. 32Ni baziika Abuneeri e Kebbulooni: kabaka n'ayimusya eidoboozi lye n'a kunga ku magombe ga Abuneeri; abantu bonabona ne bakunga amaliga.33Kabaka n'akungubagira Abuneeri n'a tumula nti Abuneeri yandifiire ng'omusirusiru bw'afa? 34Emikono gyo tegyasibiibwe, so n'ebigere byo tebyateekeibwe mu masamba: Ng'o muntu bw'agwa mu maiso g'a baana b'o butali butuukirivu, bwe wagwa otyo. Abantu bonabona ni bamukungira ate amaliga.35Abantu bonabona ni baiza okuliisya Dawudi emere obwire nga bukaali misana; naye Dawudi n'a layira ng'a tumula nti Katonda ankole atyo n'o kusingawo, bwe nakombere ku mere oba ku kirala kyonakyona, okutuusya eisana lw'e ryagwa. 36Abantu bonabona ni bakitegeera ni kibasanyusya: era nga byonabyona kabaka bye yakolere bwe byasanyusyanga abantu bonabona.37Awo abantu bonabona ne Isiraeri yenayena ne bategeera ku lunaku olwo nga tekyaviire eri kabaka okwita Abuneeri mutaane wa Neeri. 38Kabaka n'a koba abaidu be nti temumaite nga mu Isiraeri mwabe atyanu omusaiza omukulu era ow'e kitiibwa. 39Nzena atyanu ndi munafu waire nga nfukiibweku amafuta okubba kabaka: n'a basaiza bano bataane ba Zeruyiya banyoko bange obukakanyavu: Mukama asasule akolere ekibbiibi ng'obubbiibi bwe bwe buli.
1Awo Isubosesi mutaane wa Sawulo bwe yawuliire Abuneeri ng'afiiriire e Kebbulooni, emikono gye ni giyongobera, Abaisiraeri bonabona ni beeraliikirira. 2Era Isubosesi mutaane wa Sawulo yabbaire n'a basaiza babiri abaami b'e bibiina: omumu eriina lye Baana n'o w'o kubiri eriina lye Lekabu, bataane ba Limoni Omubeerosi ow'o ku baana ba Benyamini: (kubanga n'e Beerosi kibalirwa Benyamini: 3ab'e Beerosi ni bairukira e Gitayimu ne babba eyo na guno gwiza.)4Era Yonasaani mutaane wa Sawulo yabbaire n'o mwana eyalemaire ebigere. yabbaire yaakamala emyaka itaanu ebigambo bwe byatuukire okuva mu Yezuleeri ebya Sawulo n'o Yonasaani, omuleri we n'a musitula n'a iruka: awo olwatuukire bwe yayanguwire okwiruka n'agwa n'a lemala. N'e riina lye lyabbaire Mefibosesi.5Awo bataane ba Limoni Omubeerosi, Lekabu n'o Baana, ni baaba ni batuuka mu nyumba ya Isubosesi omusana nga gukalirye, bwe yabbaire ng'a wumwire mu iyangwe: 6Ne batoolayo wakati mu nyumba ng'a bataka okusyoma eŋaanu; ni bamusumita ekida: Lekabu n'o Baana mugande we ni bawona. 7Awo bwe baatukire mu nyumba, ng'a galamiire ku kitanda kye mu nyumba ye, ni bamusumita ni bamwita, ni bamuteekaku omutwe, ni batwala omutwe gwe, ni batambula mu ngira eya Alaba ni bakyesya obwire.8Ne bamuleetera Dawudi omutwe gwa Isubosesi e Kebbulooni, ne bakoba kabaka nti bona omutwe gwa Isubosesi mutaane wa Sawulo omulabe wo eyasagiire obulamu bwo: era Mukama awalanire eigwanga lya mukama wange kabaka watynu ku Sawulo n'o ku izaire lye. 9Awo Dawudi n'airamu Lekabu n'o Baana mugande we, bataane ba Limoni Omubeerosi, n'abakoba nti Mukama nga bw'ali omulamu eyanunwire emeeme yange mu kubona enaku kwonakwona, 10omuntu bwe yankobeire nti bona, Sawulo afiire, ng'a lowooza okuleeta ebigambo ebisa, awo ni mukwata ni mwitira e Zikulagi, niiye empeera gye namuwaire olw'e bigambo bye.11Kale, abantu ababbiibi nga batyaime omuntu omutuukirivu mu nyumba ye ku kitanda kye, tindisinga einu atyanu kuvunaana musaayi gwe mu mukono gwanyu, ne mbatoola ku nsi? 12Awo Dawudi n'a lagira abaisuka be, ni babaita ne babasalaku engalo n'e bigere ne babiwanika ku mbali kw'e kidiba e Kebbulooni. Naye ne batwala omutwe gwa Isubosesi ni baguziika mu magombe ga Abuneeri e Kebbulooni.
1Awo ebika byonabyona ebya Isiraeri ni baiza eri Dawudi e Kebbulooni, ni batumula nti bona, tuli magumba go era mubiri gwo. 2Mu biseera eby'eira, Sawulo nga niiye kabaka waisu, gwe wafulumirye n'o yingirya Isiraeri: Mukama n'akukoba nti iwe oliriisya abantu bange Isiraeri, era iwe olibba mukulu wa Isiraeri.3Awo abakaire bonanona aba Isiraeri ni baiza eri kabaka e Kebbulooni; kabaka Dawudi n'alagaanira nabo endagaanu e Kebbulooni mu maiso ga Mukama: ni bamufukaku Dawudi amafuta okubba kabaka wa Isiraeri. 4Dawudi yabbaire yaakamala emyaka asatu bwe yatandikire okufuga, n'a fugira emyaka ana. 5Yafugiire Yuda e Kebbulooni emyaka musanvu n'e myezi mukaaga: n'o mu Yerusaalemi yafugiire Isiraeri yenayena ne Yuda emyaka asatu na isatu.6Awo kabaka n'abasaiza be ni baaba e Yerusaalemi okulwana n'Abayebusi, abatyama mu nsi: abakobere Dawudi nti Bw'otolimalawo bazibe ba maiso n'a bawenyera, toliyingira muno: nga balowooza nti Dawudi tasobola kuyingira muno. 7Era naye Dawudi n'a menya ekigo kya Sayuuni; ekyo niikyo kibuga kya Dawudi.8Dawudi n'atumula ku lunaku olwo nti buli eyaita Abayebusi, ayambuke awali olusalosalo aite abawofu b'a maiso n'a bawenyera emeeme ya Dawudi b'e yawa. Kyebaaviire batumula nti waliwo abawofu b'amaiso n'a bawenyera; tasobola kuyingira mu nyumba. 9Dawudi n'abba mu kigo n'akyeta ekibuga kya Dawudi. Era Dawudi yazimba okwetooloola okuva e Miro n'o kulya munda. 10Awo Dawudi ni yeeyongerayongeranga okubba omukulu; kubanga Mukama, Katonda ow'e igye, yabbaire naye.11Awo Kiramu kabaka w'e Tuulo n'a tumira Dawudi ababaka n'e mivule n'a babali n'a bazimbi b'a mabbaale; ni bazimbira Dawudi enyumba. 12Awo Dawudi n'ategeera nga Mukama amunywezerye okubba kabaka wa Isiraeri, era nga agulumizirye obwakabaka bwe ku lw'a bantu be Isiraeri.13Awo Dawudi ni yeeyongera okukwa abazaana n'a bakali ng'a batoola mu Yerusaalemi, ng'a malire okuva e Kebbulooni: Dawudi n'azaalirwa ate abaana ab'o bwisuka n'a b'o buwala. 14Era gano niigo amaina g'abo abaamuzaaliirwe mu Yerusaalemi; Samuwa n'o Sobabu n'o Nasani n'o Sulemaani, 15n'o Ibali n'o Eriswa; n'o Nefegi n'o Yafiya; 16n'o Erisaama n'o Eriyada n'o Erifereti.17Awo Abafirisuuti bwe baawuliire nga bamalire okumufuka ku Dawudi amafuta okubba kabaka wa Isiraeri, Abafirisuuti bonabona ni bambuka okusagira Dawudi; Dawudi n'a kiwulira n'a serengeta mu mpuku. 18Awo Abafirisuuti babbaire bamalire ni bayanjaala mu kiwonvu Lefayimu.19Awo Dawudi n'a buulya Mukama nti nyambuke eri Abafirisuuti? Wabagabula mu mukono gwange? Mukama n'a koba Dawudi nti Yambuka: kubanga tinaleke kugabula Bafirisuuti mu mukono gwo. 20Dawudi n'aiza e Baaluperazimu, Dawudi n'a bakubbira eyo; n'a tumula nti Mukama amenyere abalabe bange, ng'a maizi bwe gamenya. Kyeyaviire atuuma ekifo ekyo eriina lyakyo Baalupera. 21Ni baleka eyo ebifaananyi byabwe, Dawudi n'a basaiza be ni babitwala.22Awo Abafirisuuti ni beeyongera okwambuka olw'o kubiri ni bayanjaala mu kiwonvu Lefayimu. 23Awo Dawudi bwe yabwirye Mukana n'a tumula nti toyambuka: weetooloole enyuma waabwe obafulume mu maiso g'e mitugunda.24Awo olwatuukire bwewawuliire eidoboozi ery'o kutambula ku masanso g’e mitugunda, kaisi n'o golokoka: kubanga awo Mukama ng'a kutangiire okukubba eigye ly'Abafirisuuti. 25Awo Dawudi n'a kola atyo nga Mukama bwe yamulagiire; n'aita Abafirisuuti okuva e Geba okutuusya lwe yatuukire e Gezeri.
1Awo Dawudi n'akuŋaanya ate abasaiza bonabona abalonde aba Isiraeri, emitwalo isatu. 2Dawudi n'agolokoka n'ayaba n'a bantu bonabona Ababbaire naye, okuva e Baale Yuda okutoolayo sanduuku ya Katonda okuginiinisya, eyetebwa Eriina lyene, eriina lya Mukama ow'e igye atyama ku bakerubbi.3Ne bateeka sanduuku ya Katonda ku gaali enjaka, ni bagitoola mu nyumba ya Abinadaabu eyabbaire ku lusozi: Uza n'e Akiyo, bataane ba Abinadaabu, ni babbinga egaali enjaka. 4Ne bagitoola mu nyumba ya Abinadaabu eyabbaire ku lusozi n'e sanduuku ya Katonda: Akiyo n'atangira esanduuku. 5Dawudi n'e nyumba yonayona eya Isiraeri ne bakubbira mu maiso ga Mukama ebintu eby'emiberosi eby'e ngeri gyonagyona n'e nanga n'e kongo n'ebitaasa n'e nsaansi n'e bisaala.6Awo bwe baatuukire mu iguuliro lya Nakoni, Uza n'a golola omukono gwe ku sanduuku ya Katonda n'a gikwataku; kubanga ente yeesiitaire.7Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Uza; Katonda n'a mukubbira eyo olw'e kyonoono kye; n'afiira awo awali sanduuku ya Katonda.8Awo Dawudi n'a nyiiga kuba Mukama awamatukiirwe Uza: n'ayeta ekifo ekyo Perezuza, ne watynu. 9Dawudi n'atya Mukama ku lunaku olwo; n'a tumula nti Esanduuku ya Mukama eriiza etya gye ndi?10Awo Dawudi n'atataka kwijulula sanduuku ya Mukama okugireeta gy'ali, mu kibuga kya Dawudi; naye Dawudi n'a gikyamya n'a giyingirya mu nyumba ya Obededomu Omugiiti. 11Awo esanduuku ya Mukama n'e mala emyezi isatu mu nyumba ya Obededomu Omugiiti: Mukama n'awa omukisa Obededomu n'e nyumba ye yonayona.12Awo ne bakobera kabaka Dawudi nti Mukama awaire omukisa enyumba ya Obededomu n'e bibye byonabyona olw'esanduuku ya Katonda. Dawudi n'ayaba n'a toola esanduuku ya Katonda mu nyumba ya Obededomu n'a giniinisirya mu kibuga kya Dawudi ng'a sanyuka. 13Awo olwatuukire abaasitula esanduuku ya Mukama bwe babbaire batambwire ebigere mukaiga, n'awaayo ente n'ekye isava.14Dawudi n'a kinira mu maiso ga Mukama n'a maani ge gonagona; era Dawudi nga yesibire ekanzo eya bafuta. 15Awo Dawudi n'e nyumba yonayona eya Isiraeri ni baninisya esanduuku ya Mukama nga batumulira waggulu era nga bafuuwa eikondeere.16Awo olwatuukiire esanduuku ya Mukama bwe yabbaire ng'e yingira mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'a lengezya mu dirisa, n'a bona kabaka Dawudi ng'a buuka ng'a kinira mu maiso ga Mukama; n'a munyooma mu mwoyo gwe. 17Ne bayingirya esanduuku ya Mukama, ne bagiteeka mu kifo kyayo wakati mu weema Dawudi gye yabbaire agisimbiire: Dawudi n'a waayo ebiweebwayo ebyokyebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maiso ga Mukama.18Awo Dawudi bwe yabbaire amalire okuwaayo ekiweebwayo ekyokyebwa n'e biweebwayo olw'emirembe, n'asabira abantu omukisa mu liina lya Mukama ow'e igye. 19N'agabira abantu bonabona, ekibiina kyonakyona ekya Isiraeri, abasaiza n'abakali, buli muntu omugaati n'o mugabo ogw'e nyama n'e kitole eky'e izaibbibu enkalu. Awo abantu bonabona ni bairayo buli muntu mu nnyumba ye.20Awo Dawudi n'a irawo okusabira ab'o mu nyumba ye omukisa. Awo Mikali muwala wa Sawulo n'a fuluma okusisinkana n'o Dawudi n'a tumula nti Kabaka wa Isiraeri ng'a bbaire we kitiibwa watynu, eyeebiikuliire watyanu mu maiso g'a bazaana b'a baidu be, ng'o mumu ku basaiza ababulaku kye bagasa bwe yeebiikula ng'abula nsoni!21Dawudi n'a koba Mikali nti Kyabbire mu maiso ga Mukama, eyanondere okusinga itaawo n'o kusinga enyumba ye yonnayona okunfuula omukulu w'a bantu ba Mukama, owa Isiraeri: kyenaavanga nzanyira mu maiso ga Mukama. 22Era neeyongeranga okwetoowaalya okusingawo, era naabbanga anyoomebwa mu maiso gange nze: naye abazaana b'o yogeireku abo balinteekamu ekitiibwa. 23Mikali muwala wa Sawulo n'atazaala mwana okutuusya ku lunaku kwe yafiiriire.
1Awo olwatuukire kabaka bwe yatyaime mu nyumba ye, era Mukama ng'amuwaire okuwumula eri abalabe be bonabona abaamwetooloire, 2awo kabaka n'a koba Nasani nabbi nti bona, nze ntyama mu nyumba ey'e mivule, naye esaaduuku ya Katonda etyama munda w'e bitimbe.3Awo Nasani n'a koba kabaka nti Yaba okole byonabyona ebiri mu mwoyo gwo; kubanga Mukama ali naiwe. 4Awo olwatuukire obwire obwo ekigambo kya Mukama ni kiizira Nasani nti 5Yaba okobere omwidu wange Dawudi nti Atyo bw'atumula Mukama nti iwe olinzimbira enyumba gye mba mbamu?6kubanga timbanga mu nyumba okuva ku lunaku lwe natoire abaana ba Isiraeri mu Misiri, ne watyanu, naye natambuliranga mu wema n'o mu nyumba entimbe. 7Mu bifo byonabyona mwe natambuliire n'a baana ba Isiraeri bonabona, nabbaire ntumwire ekigambo n'e kika kyonakyona ekya Isiraeri, kye nalagiire okuliisya abantu bange Isiraeri, nga ntumula nti kiki ekyabalobeire okunzimbira enyumba ey'e mivule?8Kale otyo bw'obba okoba omwidu wange Dawudi nti Atyo bw'atumula Mukama ow'e igye nti nakutoire mu kisibo ky'e ntama, ng'o sengererya entama, obbe omukulu w'a bantu bange, owa Isiraeri: 9era nabbanga naiwe buii gye wayabanga, era nzikiriirye abalabe bo bonabona mu maiso go; era ndikuwa eriina eikulu ng'eriina bwe liri ery'abakulu abali mu nsi.10Era nditeekerawo abantu bange Isiraeri ekifo, ni mbasimba batyamenga mu kifo kyabwe ibo, ni bataijulukuka ate; so n'a baana b'o bubbiibi nga tebakaali bababonyaabonya ng'oluberyeberye, 11era ng'o kuva ku lunaku lwe nalagiire abalamuli okufuga abantu bange Isiraeri; era ndikuwa okuwumula eri abalabe bo bonabona. Era ate Mukama akukobera nga Mukama alikukolera enyumba.12Enaku gyo bwe giribba nga gituukiriire naiwe nga wegoneire wamu n'a bazeizabo, nditeekawo eizaire lyo eririirawo eririva munda yo, era ndinywezya obwakabaka bwe. 13Oyo niiye alizimbira eriina lyange enyumba, era ndinywezya entebe ey'o bwakabaka bwe enaku gyonagyona. 14Nze ndibba itaaye yeena alibba mwana wange: bweyabanga ng'a kolere ekitali ky'o butuukirivu, namukangavulanga n'o mwigo ogw'a bantu n'e ninga egy'a baana b'a bantu;15naye okusaasira kwange tekwamuvengaku, nga bwe nakutoire ku Sawulo, gwe natoirewo mu maiso go: 16N'enyumba yo n'obwakabaka bwo birifuuka bye nkalaakalira enaku gyonagyona mu maiso go: entebe yo erinywezebwa enaku gyonagyona. 17Awo ng'e bigambo ebyo byonabona bwe biri n'o kwolesebwa okwo kwonakwona, atyo Nasani bwe yakobeire Dawudi.18Awo Dawudi kabaka kaisi n'a yingira n'a tyama mu maiso ga Mukama; n'a tumula nti ninze ani, Ai Mukama Katonda, n'e nyumba yange niikyo ki, iwe okuntuukya wano? 19N'ekyo ni kibba nga kikaali kigambo kitono mu maiso go, Ai Mukama Katonda; era naye otumwire ku nyumba y'o mwidu wo okumala ebiseera bingi ebiribbaawo; n'ekyo ng'e ngeri y'a bantu bw'eri, ai Mukama Katonda! 20Era kiki Dawudi ky'asobola okukukoba ate? kubanga Omaite omwidu wo, ai Mukama Katonda.21Olw'e kigambo kyo era ng'o mwoyo gwo iwe bwe guli kyoviire okola ebikulu ebyo byonabyona, okutegeeza omwidu wo. 22Ky'o bbeereire omukulu, ai Mukama Katonda: kubanga wabula akwekankana, so wabula Katonda wabula iwe, nga byonabyona bwe biri bye twakawulira n'a matu gaisu. 23Era igwanga ki eririmu mu nsi erifaanana abantu bo, erifaanana Isiraeri, Katonda be yagendereire okwenunulira okubba abantu be, n'o kwekolera eriina, n'o kubakolera ebikulu, n'o kukolera ensi yo eby'e ntiisya, mu maiso g'a bantu bo be weenunuliire okuva mu Misiri, okubatoola mu mawanga na bakatonda baabwe?24Ne weenywezerya abantu bo Isiraeri okubba abantu gy'oli enaku gyonagyona; naiwe, Mukama, n'o fuuka Katonda wabwe. 25Era atyanu, ai Mukama Katonda, ekigambo ky'otumwire ku mwidu wo n'o ku nyumba ye kinywezye enaku gyonagyona, era kola nga bw'otumwire. 26Era eriina lyo ligulumizibwe enaku gyonagyona, nga batumula nti Mukama ow'e igye niiye Katonda afuga Isiraeri: n'e nyumba ey'omwidu wo Dawudi erinywezebwa mu maiso go.27Kubanga iwe, ai Mukama ow'e igye, Katonda wa Isiraeri, obiikuliire omwidu wo, ng'o tumula nti ndikuzimbira enyumba: omwidu wo kyaviire ayaŋanga okukusaba okusaba kuno. 28Era, ai Mukama Katonda, niiwe Katonda, n'e bigambo byo mazima, era osuubizirye omwidu wo ekigambo ekyo ekisa 29kale ikirirya okuwa omukisa enyumba ey'o mwidu wo, ebbenga mu maiso go enaku gyonagyona: kubanga iwe, ai Mukama Katonda, okitumwire: era enyumba y'o mwidu wo eweebwenga omukisa gwo enaku gynagyona.
1Awo olwatuukire oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'akubba Abafirisuuti n'abawangula: Dawudi n'atoolayo olukoba lw'e kibuga maye w'e nsi mu mukono gw'Abafirisuuti.2N'akubba Mowaabu, n'abagera n'o muguwa, ng'abagalamiirye wansi; n'a geraku emigwa ibiri egy'o kwita n'o mugwa ogumu omulamba ogw'o kuwonya abalamu. Abamowaabu ni bafuuka baidu ba Dawudi ni baleeta ebirabo.3Era Dawudi n'akubba no Kadadezeri mutaane wa Lekobu, kabaka w'e Zoba, bwe yaabire okujeemulula amatwale ge ku mwiga. 4Dawudi n'a mutoolaku abasaiza abeebagala embalaasi lukumi mu lusanvu, n'a batambula n'e bigere emitwalo ibiri: Dawudi n'agitema enteega embalaasi gyonagyona egyamagaali, naye n'a gisaku egy'a magaali kikumi.5Awo Abasuuli ab'e Damasiko bwe baizire okwirukirira Kadadezeri kabaka w'e Zoba, Dawudi n'aita ku Basuuli abasaiza emitwalo ibiri mu enkumi ibiri. 6Awo Dawudi n'ateeka ebigo mu Busuuli obw'e Damasiko: Abasuuli ni bafuuka baidu ba Dawudi, ne baleeta ebirabo. Mukama n'a muwanga Dawudi okuwangula buli gye yayabanga.7Dawudi n'anyaga engabo egye zaabu egyabbaire ku baidu ba Kadadezeri n'a gitwala e Yerusaalemi. 8N'o mu Beta n'o mu Berosayi, ebibuga bye Kadadezeri, kabaka Dawudi n'atoolamu ebikomo ebyayingiriire obusa.9Awo Toyi kabaka w'e Kamasi bwe yawuliire nga Dawudi akubbire eigye lyonalyona erye Kadadezeri, 10awo Toyi n'atuma Yolaamu mutaane we eri kabaka Dawudi okumusugirya n'o kumwebalya, kubanga alwaine n'o Kadadezeri n'a mukubba: kubanga Kadadezeri yalwananga n'o Toyi. Yolaamu n'aleeta wamu naye ebintu ebye feeza n'e bintu eby'e zaabu n'e bintu eby'e bikomo:11n'ebyo kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu n'e feeza n'e zaabu gye yawongere gye yatoire ku mawanga gonagona ge yawangwiire; 12ku Busuuli n'e Mowaabu n'a baana b'Amoni n'Abafirisuuti ne Amaleki n'o ku munyago gwa Kadadezeri, mutaane wa Lekobu, kabaka w'e Zoba.13Dawudi ne yeefunira eriina bwe yairirewo ng'amalire okukubba Abasuuli mu Kiwonvu eky'Omunyu, abasaiza omutwalo gumu mu kanaana. 14N'ateeka ebigo mu Edomu; yateekere ebigo okubuna Edomu, Abaedomu bonabona ne bafuuka baidu ba Dawudi. Mukama n'amuwanga Dawudi okuwangula buli gye yayabanga.15Awo Dawudi n'afuga Isiraeri yenayena: Dawudi n'asalira abantu be bonabona emisango gye nsonga era gya mazima. 16N'o Yowaabu mutaane wa Zeruyiya niiye yabbaire omukulu w'e igye; n'o Yekosafaati mutaane wa Akirudi niiye yabbaire omwijukirya: 17n'o Zadoki mutaane wa Akitubu n'o Akimereki mutaane wa Abiyasaali niibo babbaire bakabona; n'o Seroya niiye yabbaire omuwandiiki; 18n'o Benaya mutaane wa Yekoyaada niiye yabbaire omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi; na bataane ba Dawudi niibo babbaire abakulu.
1Dawudi n'atumula nti wakaali waliwo asigairewo ku nyumba ya Sawulo, mukole eby'e kisa ku lwa Yonasaani? 2Awo wabbairewo ku nyumba ya Sawulo omwidu eriina lye Ziba, ni bamweta eri Dawudi; kabaka n'a mukoba nti Iwe Ziba? N'a tumula nti Omwidu wo niiye oyo.3Kabaka n'a tumula nti tiwakaali waliwo w'e nyumba ya Sawulo mukole eby'e kisa kya Katonda? Ziba n'a koba kabaka nti wakaali waliwo omwana wa Yonasaani, eyalemaire ebigere. 4Kabaka n'a mukoba nti ali waina? Ziba n'a koba kabaka nti bona, ali mu nyumba ya Makiri Mutaane wa Amiyeri mu Lodebali.5Awo kabaka Dawudi n'atuma n'a mutoola mu nyumba ya Makiri Mutaane wa Amiyeri mu Lodebali. 6Awo Mefibosesi mutaane wa Yonasaani mutaane wa Sawulo n'aiza eri Dawudi n'a vuunama amaiso ge ni yeeyanzya. Dawudi n'atumula nti Mefibosesi. N'airamu nti bona omwidu wo.7Dawudi n'a mukoba nti totya: kubanga tinaleke kukukola bye kisa ku lwa Yonasaani itaawo, era ndikwirirya ebyalo byonabyona ebya Sawulo zeizawo; era walyanga emere ku meenza yange enaku gyonagyona. 8Ni yeeyanzya n'a tumula nti omwidu wo niiye ani iwe okumulingirira embwa enfu nga nze bwe ndi?9Awo kabaka n'a yeta Ziba, omwidu wa Sawulo, n'a mukoba nti byonabyona ebyabanga ebya Sawulo n'e by'e nyumba ye yonayona mbiwaire omwana wa mukama wo. 10Wena wamulimiranga etakali, iwe n'a bataane bo n'a baidu bo; era wayingiryanga ebibala omwana wa mukama wo abbenga ne byeyalyanga: naye Mefibosesi omwana wa mukama wo yaalyanga emere enaku gyonagyona ku meenza yange. Era Ziba yabbaire n'a baana ikumi n'a bataanu n'a baidu abiri.11Awo Ziba n'akoba kabaka nti Mukama wange kabaka nga bw'alagiire omwidu we, atyo omwidu wo bweyakolanga. Mefibosesi, bwe yatumwire kabaka, yalyanga ku meenza yange ng'o mumu ku baana ba kabaka. 12Era Mefibosesi yabbaire omwana omutomuto omwisuka, eriina lye Miika. Ne bonabona Ababbaire mu nyumba ya Ziba babbaire baidu ba Mefibosesi. 13Awo Mefibosesi n'abba mu Yerusaalemi: kubanga yalyanga buliigyo ku meenza ya kabaka; era yalemaire ebigere bye byombiri.
1Awo olwatuukire oluvanyuma lw'ebyo kabaka w'a baana ba Amoni n'afa, Kanuni mutaane we n'afuga mu kifo kye. 2Dawudi n'atumula nti Nakola Kanuni mutaane wa Nakasi eby'e kisa, nga itaaye bwe yankolere eby'ekisa. Awo Dawudi n'atuma abaidu be okumukubbagizya olwa itaaye. Abaidu ba Dawudi ni batuuka mu nsi ey'a baana ba Amoni. 3Naye abakulu b'a baana ba Amoni ni bakoba Kanuni mukama waabwe nti Olowooza nga Dawudi amuteekamu ekitiibwa itaawo n'a kutumira ab'o kukukubbagizya? Dawudi takutumiire baidu be okukebera ekibuga n'o kukikeeta n'o kukimenya?4Awo Kanuni n'atwala abaidu ba Dawudi n'abamwaku ekitundu ky'e birevu byabwe n'a basalira ebivaalo byabwe wakati, okukoma ku matako gaabwe, n'a basindika. 5Awo bwe bakikobeire Dawudi, n'atuma okubasisinkana; kubanga abasaiza abo ni bakwatibwa inu ensoni. Kabaka n'atumula nti mubbe e Yeriko ebirevu byanyu bimale okukula, kaisi mwirewo.6Awo abaana ba Amoni bwe baboine Dawudi ng'a batamiire, abaana ba Amoni ni batuma ne bagulirira Abasuuli ab'e Besulekobu, n'Abasuuli ab'e Zoba, abaatambula n'e bigere emitwalo ibiri, n'o kabaka w'e Maaka ng'alina abasaiza lukumi, n'abasaiza ab'e Tobu abasaiza mutwaalo gumu mu nkumi ibiri. 7Awo Dawudi bwe yakiwuliire, n'atuma Yowaabu n'e igye lyonalyona ery'a basaiza ab'a maani. 8Awo abaana ba Amoni ni bafuluma ne basimba enyiriri awayingirirwa mu mulyango: n'Abasuuli ab'e Zoba n'ab'e Lekobu n'abasaiza ab'e Tobu n'e Maaka babbaire bonka ku itale.9Awo Yowaabu bwe yaboine olutalo nga luli mu maiso ge n'e nyuma we, n'ayawulamu abasaiza bonabona aba Isiraeri abalonde ni basimba enyiriri okwolekera Abasuuli: 10abantu bonabona abandi n'abakwatisya mu mukono gwa Abisaayi mugande we, ni basimba enyiriri okwolekera abaana ba Amoni.11N'atumula nti Abasuuli bwe banema, kale iwe wambeera: naye abaana ba Amoni bwe bakulema, kale naiza ni nkuyamba. 12Iramu amaani twerage obusaiza olw'a bantu baisu n'o lw'e bibuga bya Katonda waisu: era Mukama akole nga bw'a siima.13Awo Yowaabu n'a bantu ababbaire naye ni basembera ku lutalo okulwana n'A basuuli: ni bairuka mu maiso ge. 14Awo abaana ba Amoni bwe baboine Abasuuli nga bairukire, era boona ni bairuka mu maiso ga Abisaayi, ni bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu kaisi n'ava ku baana ba Amoni n'airayo n'a iza e Yerusaalemi.15Awo Abasuuli bwe baboine nga babbingiibwe mu maiso ga Isiraeri, ni bakuŋaana. 16Awo Kadadezeri n'a tuma n'atoolayo Abasuuli ababbaire emitala w'Omwiga: ne baiza e Keramu, Sobaki omukulu w'e igye lya Kadadezeri ng'abatangiire.17Ne bakobera Dawudi; n'akuŋaanya Isiraeri yenayena, n'asomoka Yoludaani n'aiza e Keramu. Abasuuli ne basimba enyiriri okwolekera Dawudi ni balwana naye. 18Abasuuli ne bairuka mu maiso ga Isiraeri; Dawudi n'aita ku Basuuli abasaiza ab'o mu magaali lusanvu, n'a beebagala embalaasi emitwalo ina, n'asumita Sobaki omukulu w'e igye lyabwe n'afiira eyo. 19Awo bakabaka bonabona ababbaire abaidu ba Kadadezeri bwe baboine nga babbingiibwe mu maiso ga Isiraeri, ne batabagana n'e Isiraeri, ni babaweererya. Awo Abasuuli ne batya okweyongera ate okuyamba abaana ba Amoni.
1Awo olwatuukire omwaka bwe gwatukiriire mu kiseera bakabaka mwe batabaaliire, Dawudi n'atuma Yowaabu n'a baidu be awamu naye n'e Isiraeri yenayena; ne bazikirirya abaana ba Amoni ne bazingizya bona. Naye Dawudi n'a sigala e Yerusaalemi.2Awo olwatuukire olweigulo Dawudi n'agolokoka n'ava ku kitanda kye n'a tambula waigulu ku nyumba ya kabaka: era ng'a yema ku nyumba n'abona omukali ng'a naaba; era omukali yabbaire musa inu okulingirira. 3Awo Dawudi n'atuma n'a buulya omukali bw'ali. Ni wabbaawo eyatumwire nti oyo ti Basuseba muwala wa Eriyaamu, mukali wa Uliya Omukiiti?4Awo Dawudi n'atuma ababaka n'amutwala; n'ayingira gy'ali n'a gona naye; (kubanga yabbaire alongoosebwa obutali bulongoofu bwe;) omukali n'airayo mu nyumba ye. 5Omukali n'abba ekida; n'a tuma n'a kobera Dawudi n'a tumula nti ndi kida.6Dawudi n'atumira Yowaabu nti mpeererya Uliya Omukiiti. Yowaabu n'a weererya Uliya eri Dawudi. 7Awo Uliya bwe yaizire gy'ali, Dawudi n'a mubuulya Yowaabu bwe yabbaire n'a bantu bwe babbaire n'o lutalo bwe lwabbaire. 8Dawudi n'akoba Uliya nti Serengeta mu nyumba yo onaabe ebigere. Uliya n'ava mu nyumba ya kabaka, ni wamusengererya omuwumbo (gw'e mere) oguviire eri kabaka.9Naye Uliya n'a gona ku mulyango gw'e nyumba ya kabaka wamu n'a baidu bonabona aba mukama we, n'ataserengeta mu nyumba ye. 10Awo bwe baamukobeire Dawudi nti Uliya teyaserengetere mu nyumba ye, Dawudi n'a koba Uliya nti toviire mu lugendo? kiki ekyakulobeire okuserengeta mu nyumba yo? 11Uliya n'a koba Dawudi nti esanduuku n'e Isiraeri n'e Yuda bagona mu nsiisira; n'o mukama wange Yowaabu n'a baidu ba mukama wange basiisiire ku itale mu ibbanga; nze ono nayaba mu nyumba yange okulya n'o kunywa n'o kugona n'o mukali wange? nga bw'oli omulamu n'e meeme yo nga bw'eri enamu tinjaba kukola kigambo ekyo.12Awo Dawudi n'a koba Uliya nti mala wano n'olwa watyanu, amakeeri nkusindike. Awo Uliya n'a mala olunaku olwo n'o lw'a makeeri mu Yerusaalemi. 13Awo Dawudi bwe yamwetere n'alya n'a nywira mu maiso ge; n'a mutamiirya: awo olweigulo n'afuluma okugona ku kitanda kye wamu n'a baidu ba mukama we, naye n'ataserengeta mu nyumba ye.14Awo olwatuukire amakeeri Dawudi n'a wandiikira Yowaabu ebbaluwa, n'agiweerererya mu mukono gwa Uliya. 15N'awandiika mu bbaluwa nti muteeke Uliya mu maiso awali olutalo olw'a maani; mumwabulire, kaisi bamusumite afe:16Awo olwatuukire Yowaabu bwe yekaanyire ekibuga, n'awa Uliya ekifo we yamaite nga niiwo awali abazira. 17Abasaiza ab'o mu kibuga ni bafuluma ne balwana n'o Yowaabu: awo ku bantu ni kufaaku abamu, ku baidu ba Dawudi; Uliya Omukiiti yeena n'afa.18Awo Yowaabu n'a tuma n'akobera Dawudi eby'o lutalo byonabyona; 19n'akuutira omubaka ng'a tumula nti bw'olibba ng'o malire okukobera kabaka eby'o lutalo byonabyona, 20awo alwatuukire kabaka bweyasunguwaire, n'a kukoba nti kiki ekyabasembeirye mutyo okumpi: n'e kibuga okulwana? temaite nga balyema ku bugwe okulasa:21yani eyaitire Abimereki Mutaane wa Yerubbesesi? omukali teyamukasukireku enso ng'a yema ku bugwe n'a fiira e Sebezi? kiki ekyabasembeirye mutyo okumpi n'o bugwe? awo watumula nti n'o mwidu wo Uliya Omukiiti yena afiire.22Awo omubaka n'a yaba n'aiza n'ategeeza Dawudi byonabyona Yowaabu bye yamutumire. 23Omubaka n'a koba Dawudi nti Abasaiza batuyiwireku amaani ni batulumba ewanza mu ibbanga, ne tufunvubira nabo okutuusya awayingirirwa mu mulyango.24Abalasi ni balasa abaidu bo nga beema ku bugwe; era ku baidu ba kabaka kufiireku abamu, n'o mwidu wo Uliya Omukiiti yeena afiire. 25Awo Dawudi n'a koba omubaka nti otyo bw'obba okoba Yowaabu nti ekigambo ekyo kireke okukunyiizya, kubanga ekitala kirya nga kyenkanya omuntu n'o mwinaye: weeyongere okunywezya olutalo lwo okulwana n'e kibuga okimenye: era omugumyanga omwoyo.26Awo muka Uliya bwe yawuliire ibaye ng'afiire n'a kungubagira ibaye. 27Awo bwe yamalire okwabya olumbe, Dawudi n'a tuma n'a muleeta ewuwe, n'abba mukali we n'a muzaalira omwana ow'o bwisuka. Naye ekigambo Dawudi kye yakolere ni kinyiizya Mukama.
1Awo Mukama n'a tuma Nasani eri Dawudi. N'a iza gy'ali n'a mukoba nti wabbairewo abasaiza babiri mu kibuga kimu; omumu nga mugaiga n'o mwinaye nga mwavu. 2Omugaiga yabbaire n'e ntama n'e nte nyingi inu dala: 3naye omwavu tiyabbaire na kantu wabula akaana k'e ntama akaluusi ke yagulire n'a kalera: ni kakulira wamu naye n'a baana be; kaalyanga ku kamere ye iye, ni kanywa ku ndeku ye iye, ni kagalamira mu kifuba kye ni kabba gy'ali ng'o muwala we.4Awo ni waiza omutambuli eri omugaiga oyo, n'aleka okutoola ku ntama gye iye n'o ku nte gye iye, okufumbira omutambuli eyaizire gy'ali, naye n'atwala omwana gw'e ntama ogw'o mwavu, n'a gufumbira omusaiza aizire gy'ali. 5Dawudi n'asunguwalira inu omusaiza; n'a koba Nasani nti Mukama nga bw'ali omulamu, omusaiza eyakolere ekyo asaaniire kufa: 6era aliiryawo omwana gw'e ntama emirundi ina, kubanga yakolere ekyo, era kubanga tiyabbaire n'o kusaasira.7Awo Nasani n'a koba Dawudi nti niiye iwe. Atyo bw'atumula Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Nakufukireku amafuta okubba kabaka wa Isiraeri ni nkutoola mu mukono gwa Sawulo; 8ni nkuwa enyumba ya mukama wo, na bakali ba mukama wo ni mbakuwa mu kifubba kyo, ni nkuwa enyumba ya Isiraeri n'eya Yuda; n'e byo singa bibbaire bitono, nandikwongeireku bino na bino.9Kiki ekikunyoomeserye ekigambo kya Mukama okukola ebiri mu maiso ge ebibbiibi? oitire Uliya Omukiiti n'e kitala n'o twala mukali we okubba omukali wo, n'o mwita n'e kitala eky'abaana ba Amoni. 10Kale ekitala tekyavenga mu nyumba yo enaku gyonagyona; kubanga onyoomere nze n'o twala mukali wa Uliya Omukiiti okubba omukali wo.11Atyo bw'atumula Mukama nti bona, ndikuyimusiryaku obubbiibi obuliva mu nyumba yo iwe, era nditwala bakalibo mu maiso go ne mbawa muliiraanwa wo, era aligona na bakali bo mu maiso g'e isana lino. 12Kubanga iwe wakikolere mu kyama: naye nze ndikola ekigambo ekyo mu maiso ga Isiraeri yenayena n'o mu maiso g'e isana. 13Awo Dawudi n'a koba Nasani nti nyonoonere Mukama. Nasani n'a koba Dawudi nti Mukama yena atoolewo ekyonoono kyo; toofe.14Naye kubanga owaire abalabe ba Mukama eibbanga inene okuvoola olw'e kikolwa ekyo, omwana akuzaaliirwe talireka kufa naye. 15Awo Nasani ne yeirirayo mu nyumba ye. Awo Mukama n'a lwalya omwana muka Uliya gwe yazaaliire Dawudi, n'a lwala inu.16Dawudi kyeyaviire amwegayiririra omwana eri Katonda; Dawudi n'asiiba n'ayingira n'a galamira ku itakali okukyesya obwire. 17Awo Abakaire ab'o mu nyumba ye ni bagolokoka (ni bemerera) w'ali, okumuyimusya okuva wansi: naye n'ataikirirya so teyalire mere nabo. 18Awo olwatuukire ku lunaku olw'omusanvu omwana n'afa. Abaidu ba Dawudi ne batya okumukobera omwana ng'afiire: kubanga batumwire nti bona, omwana bwe yabbaire ng'akaali mulamu ni tutumula naye, n'atawulira idoboozi lyaisu: kale yeraliikirira atya bwe twamukobera omwana ng'afiire?19Naye Dawudi bwe yaboine abaidu be nga batumula wamu ekyama, Dawudi n'ategeera omwana ng'a fiire: Dawudi n'a koba abaidu be nti Omwana afiire? Ni batumula nti afiire. 20Awo Dawudi n'ava wansi n'a golokoka n'anaaba n'a siiga amafuta n'a waanyisya ebivaalo bye; n'aiza mu nyumba ya Mukama n'a sinza: Kaisi naiza mu nyumba ye; awo bwe yatakire ne bateeka emere mu maiso ge n'alya.21Awo abaidu be ni bamukoba nti kigambo ki kino ky'okolere? Wasiibire n'o kungira omwana bwe yabbaire ng'a kaali mulamu; naye omwana ng'afiire, n'o golokoka n'olya ku mere. 22N'akoba nti omwana bwe yabbaire ng'akaali mulamu, nasiibire ni nkunga: kubanga natumwire nti yani amaite oba nga Mukama tankwatirwe kisa omwana abbe omulamu. 23Naye atyanu ng'a malire okufa, nandisiibiire ki? nsobola okumwiryawo? nze ndyaba gy'ali naye iye taliirawo gye ndi.24Dawudi n'akubbagizya Basuseba mukali we n'ayingira gy'ali n'a gona naye: n'azaala omwana ow'o bwisuka n'a mutuuma eriina lye Sulemaani. Mukama n'a mutaka; 25Mukama n'atuma mu mukono gwa Nasani nabbi, n'a mutuuma eriina lye Yedidiya, ku lwa Mukama.26Awo Yowaabu n'a lwana n'o Labba eky'a baana ba Amoni n'a menya ekibuga kya kabaka. 27Awo Yowaabu n'atumira Dawudi ababaka n'a tumula nti nwaine n'o Labba, n'o kumenya menyere ekibuga eky'a maizi. 28Kale kuŋaanya abantu bonabona abasigairewo ozingizye ekibuga okimenye: ndeke okumenya ekibuga ni bakituuma eriina lyange.29Dawudi n'akuŋaanya abantu bonabona n'a yaba e Labba, n'a lwana nakyo n'a kimenya. 30N'atoola engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe; n'obuzito bwayo bwabbaire talanta eya zaabu, ne mu iyo nga mulimu amabbaale ag'o muwendo omungi; n'eteekebwa ku mutwe gwa Dawudi. N'atoolamu omunyago ogw'e kibuga, mungi inu dala.31N'atoolamu abantu ababbaire omwo, n'abateeka wansi w'e misumeeni n'a mainu ag'e kyoma n'e mpasa egy'e kyoma, n'a babitya mu kyokyeryo ky'a matafaali: awo atyo bwe yakolere ebibuga byonabyona eby'a baana ba Amoni. Dawudi n'abantu bonabona ni bairayo e Yerusaalemi.
1Awo olwatuukire oluvanyuma lw'ebyo Abusaalomu mutaane wa Dawudi yabbaire n'o mwanyokowe omusa, eriina lye Tamali; Amunoni mutaane wa Dawudi n'a mutaka. 2Awo Amunoni ne yeeraliikirira atyo n'o kulwala n'a lwala olwa mwanyokowe Tamali; kubanga yabbaire akaali kumanya musaiza; Amunoni n'a kirowooza nga kizubu okumukola ekigambo kyonakyona.3Naye Amunoni yabbaire mukwanu gwe, eriina lye Yonadabu, mutaane wa Simeya mugande wa Dawudi: era Yonadabu yabbaire musaiza mugerengetanya inu. 4N'a mukoba nti ekikuyondya otyo buliijo buliijo kiki, iwe omwana wa kabaka? tonkobere? Amunoni n'a mukoba nti ntaka Tamali mwanyoko wa mugande wange Abusaalomu.5Awo Yonadabu n'a mukoba nti Galamira ku kitanda kyo weerwalyerwalye: kale itaawo bw'alibba ng'a malire okukubona, n'o mukoba nti Mwanyoko wange Tamali aize, nkwegayiriire, ampe emere okulya, era afumbe emere mu maiso gange ngibone ngiriire mu ngalo gye. 6Awo Amunoni n'a galamira ne yeerwalyalwalya: awo kabaka bwe yaizire okumubona, Amunoni n'a koba kabaka nti mwanyoko wange Tamali aize, nkwegayiriire, anfumbire emigaati ibiri mu maiso gange ndiire mu ngalo gye.7Awo Dawudi n'a tuma eika eri Tamali ng'a tumula nti Yaba eri enyumba ya mugande we Amunoni omufumbire emere. 8Awo Tamali n'a yaba eri enyumba ya mugande we Amunoni; iye ng'agalamiire. N'airira obwita n'abudyokola n'abbumba emigaati mu maiso ge n'a yokya emigaati. 9N'a irira ekikalangu n'a gifuka mu maiso ge; naye n'a gaana okulya. Amunoni n'akoba nti Abasaiza bonabona bave we ndi. Ne bava w'ali buli musaiza.10Amunoni n'a koba Tamali nti Leeta emere mu kisenge ndiire mu ngalo gyo. Tamali n'a irira emigaati gy'a fumbire n'a gireeta mu kisenge eri Amunoni mwanyokowe. 11Awo bwe yagimusembereirye okulya n'a mukwata n'a mukoba nti iza ogone nanze, mwanyonko wange. 12N'a mwiramu nti bbe, mwanyoko wange, tonkwata; kubanga tekigwaniire kukola kigambo ekifaanana kityo mu Isiraeri: tokola busirusiru buno.13Nzena naatwala waina obuwemu bwange? naiwe olibba ng'o mumu ku basirusiru mu Isiraeri. Kale, nkwegayiriire, tumula n'o kabaka; kubanga taiza kukunyima. 14Naye n'a taikirirya kuwulira idoboozi lye: naye kubanga yamusingire amaani n'a mukwata n'a gona naye.15Awo Amunoni kaisi n'a mukyawa ekitakyayika; kubanga okukyawa kwe yamukyawire kwasingire okutaka kwe yamutakire. Amunoni n'a mukoba nti Golokoka oyabe. 16N'atumula nti bbe, kubanga ekyonoono kino kinene ky'onkola ng'o mbinga kisinga kidi ky'o nkolere. Naye n'ataganya kumuwulira. 17Awo kaisi nayeta omwidu we eyamuweereryanga n'a tumula nti fulumya omukali ono ave we ndi, osibe olwigi enyuma we.18Era yabbaire avaire ekivaalo eky'a mabala amangi: kubanga bwe bavalanga batyo abawala ba kabaka abatamaite musaiza. Awo omwidu we n'a mufulumya n'asiba olwigi enyuma we. 19Awo Tamali n'a teeka eikoke ku mutwe gwe n'a kanula ekivaalo kye eky'a mabala amangi kye yabbaire avaire; ne yeetiika omukono gwe n'ayaba ng'a kunga.20Abusaalomu mwanyokowe n'a mukoba nti Amunoni mwanyoko abbaire ki naiwe? naye atyanu sirika, mwanyoko wange: niiye mwanyokowo; ekigambo ekyo kireke okukunakuwalya omwoyo. Awo Tamali n'abba mu nyumba ya mwanyoko we Abusaalomu nga bula ibaye. 21Awo kabaka Dawudi bwe yawuliire ebyo byonabyona, n'a sunguwala inu. 22Abusaalomu n'atatumula n'o Amunoni waire ebisa waire ebibbiibi: kubanga Abusaalomu yakyawire Amunoni, kubanga yabbaire akwaite Tamali mwanyokowe.23Awo olwatuukire emyaka ibiri emirambirira bwe gyabitirewo, Abusaalomu yabbaire n'abasala ebyoya by'e ntama gye e Baalukazoli, ekiri ku mbali kwa Efulayimu: Abusaalomu n'ayeta abaana ba kabaka bonabona. 24Abusaalomu n'a iza eri kabaka n’a tumula nti bona, omwidu wo alina abasala ebyoya by'e ntama; weire, kabaka n'a baidu be baaba n'o mwidu wo.25Kakaka n'a koba Abusaalomu nti bbe, mwana wange, tuleke okwaba fenafena, tuleke okukuzitoowerera. N'a mutayirira: naye n'ataikirirya kwaba, naye n'a musabira omukisa. 26Awo Abusaalomu n'a tumula nti ogaine, nkwegayiriire mugande wange Amunoni ayabe naife. Kabaka n'a mukoba nti ekyabba kimutwala naiwe kiki?27Naye Abusaalomu n'a mutayirira aikiririrye Amunoni n'a baana ba kabaka bonabona okwaba naye. 28Awo Abusaalomu n'alagira abaidu be ng'atumula nti Mwekaanye, omwoyo gwa Amunoni nga gusanyukire olw'o mwenge; awo bwe nabakoba nti Musumite Amunoni, mumwite, temutya: ti ninze mbalagiire? mugume emyoyo mubbe abazira. 29Abaidu ba Abusaalomu ne bakola Amunoni nga Abusaalomu bw'a lagiire. Awo abaana ba kabaka bonabona kaisi nebagolokoka, ne beebagala buli muntu enyumbu ye ne bairuka.30Awo olwatuukire bwe babbaire nga bakaali mu ngira, Dawudi n'a leeterwa ebigambo nga batumula nti Abusaalomu aitire abaana ba kabaka bonabona, tekusigaire n'o mumu. 31Awo kabaka n'a golokoka n'a kanula ebivaalo bye n'a galamira ku itakali; abaidu be bonabona ni bemerera gy'ali nga bakanwire engoye gyabwe.32Yonadabu, mutaane wa Simeya mugande wa kabaka, n'a iramu n'a tumula nti mukama wange aleke okulowooza nga baitire abaisuka bonabona abaana ba kabaka; kubanga Amunoni yenka niiye afiire: kubanga Abusaalomu yateeserye atyo ng'a kimalirira okuva ku lunaku lwe yakwaite Tamali mwanyokowe. 33Kale mukama wange kabaka ekigambo ekyo kireke okumunakuwalyanga omwoyo okulowooza ng'a baana ba kabaka bonabona bafiire: kubanga Amunoni yenka niiye afiire.34Naye Abusaalomu n'a iruka. Awo omulenzi eyakuumanga n'a yimusya amaiso ge n'a linga, awo, bona, abantu bangi nga baiza nga bafuluma mu ngira ey'o ku lusozi enyuma we. 35Awo Yonadabu n'a koba kabaka nti bona, abaana ba kabaka batuukire: ng'o mwidu wo bw'atumwire, bwe kiri kityo. 36Awo olwatuukire bwe yamalire okutumula, awo, bona, abaana ba kabaka ni baiza ne bayimusya eidoboozi lyabwe n'o bakaaba: era n'o kabaka n'a baidu be bonabona ni bakunga inu dala.37Naye Abusaalomu n'a iruka, n'a yaba eri Talumayi mutaane wa Amikuli, kabaka w'e Gesuli. Dawudi n'a nakuwaliranga mutaane we buli lunaku. 38Awo Abusaalomu n'a iruka n'a yaba e Gesuli, n'a malayo emyaka isatu. 39Dawudi ne yeegomba okuvaayo okwaba eri Abusaalomu: kubanga yakubbagiziibwe olwa Amunoni, okubba ng'a fiire.
1Awo Yowaabu mutaane wa Zeruyiya n'a tegeera ng'o mwoyo gwa kabaka guli eri Abusaalomu. 2Yowaabu n'atuma e Tekowa n'a syomayo omukali ow'a magezi n'a mukoba nti nkwegayiriire, weefuule ng'a fiiriirwe, ovaale ebivaalo eby'o kufiirwa, nkwegayiriire, so tosaaba mafuta, naye weefuule ng'o mukali eyaakamala ebiseera bingi ng'a kungira omufu: 3oyingire eri kabaka omukobe otyo. Awo Yowaabu n'a muweererya ebigambo.4Awo omukali ow'e Tekowa bwe yatumwire n'o kabaka, n'a vuunama amaiso ge ni yeeyanzya n'a tumula nti mbeera, ai kabaka. 5Kabaka n'a mukoba nti obbaire otya? N'airamu nti Mazima nze ndi Mukali namwandu, n'o ibawange yafiire. 6Era omuzaana wo yabbaire n'a baana babiri, ni balwana bombiri ku itale, so nga wabula w'o kubataasya, naye omumu n'a sumita mwinaye n'a mwita.7Kale, bona, ekika kyonakyona kimugolokokeireku omuzaana wo era batumwire nti waayo oyo eyasumitire mugande we tumwite olw'o bulamu bwa mugande we gwe yaitire; twite tutyo n'o musika: kale batyo balikirya eryanda lyange erisigairewo, ni batamulekera ibawange liina waire ekitundu ekifiikirewo ku itakali lyonalyona.8Awo kabaka n'a koba omukali nti yaba ewuwo, nzena n'a lagira ebigambo byo bwe byabba. 9Awo omukali ow'e Tekowa n'akoba kabaka nti Mukama wange, ai kabaka, obutali butuukirivu bubbe ku nze n'o ku nyumba ya itawange: kabaka abbe nga abulaku musango n'e ntebe ye ey'o bwakabaka.10Kabaka n'a tumula nti buli eyakukobanga ekigambo kyonakyona, omuleetanga gye ndi so talikukwataku lwo kubiri. 11Awo kaisi n'atumula nti nkwegayiriire, kabaka aijukire Mukama Katonda wo, awalana eigwanga lw'o musaayi aleke okweyongera okuzikirirya, baleke okuzikirirya mutaane wange. N'a tumula nti Mukama nga bw'ali omulamu, tiwalibba luziiri lumu lwa mutaane wo oluligwa wansi.12Awo omukali n'a tumula nti nkwegayiriire, omuzaana wo atumule ekigambo n'o mukama wange kabaka. N'atumula nti tumula. 13Omukali n'a tumula nti kale wateeserye ki ekigambo ekifaanana kityo eri abantu ba Katonda? kubanga kabaka bw'a tumula ekigambo ekyo, ali sooti aliku omusango, kubanga kabaka takomere awo eika owuwe eyabbingiibwe. 14Kubanga kitugwanira okufa, era tuliŋanga amaizi agabitire wansi agatasoboka kuyooleka ate; so Katonda tatoolawo bulamu, naye y'a sala amagezi oyo eyabbingiibwe aleke okuba omwiruki gy'ali.15Kale kubanga ngizire okutumula ekigambo ekyo n'o mukama wange kabaka, kyenviire ngiza kubanga abantu bantiisirye: omuzaana wo n'a tumula nti atyanu natumula n'o kabaka; koizi kabaka alikola omuzaana we by'a mwegayiriire. 16Kubanga kabaka yawulira, okuwonya omuzaana we mu mukono gw'o musaiza ataka okunzikirirya fembiri n'o mutaane wange okututoola mu busika bwa Katonda. 17Awo omuzaana wo Kaisi n'a tumula nti nkwegayiriire, ekigambo kya mukama wange kabaka kibbe kyo kusanyusya: kubanga mukama wange kabaka aliŋanga malayika wa Katonda okwawulamu ebisa n'e bibbiibi: era Mukama Katonda wo abbe naiwe.18Awo kabaka kaisi nairamu n'akoba omukali nti Tongisa, nkwegayiriire, ekigambo kyonakyona kye naakubuulya. Omukali n'atumula nti Mukama wange kabaka atumule atyanu. 19Kabaka n'a tumula nti Omukono gwa Yowaabu guli naiwe mu bino byonabyona? Omukali n'a iramu n'a tumula nti nga iwe bw'oli omulamu, mukama wange kabaka, wabula asobola okukyama ku mukono omulyo waire ku mugooda okuva ku kigambo kyonakyona mukama wange kabaka ky'atumwire: kubanga omwidu wo Yowaabu niiye yandagiire, era niiye yaweereire omuzaana wo ebigambo bino byonabyona: 20okuwaayisya ekigambo bwe kifaanana omwidu wo Yowaabu kyaviire akola kino: era mukama wange mugezigezi ng'a magezi bwe gali aga malayika wa Katonda, okumanya byonabyona ebiri mu nsi.21Kabaka n'a koba Yowaabu nti bona, ekigambo kino nkikolere: kale yaba omwiryewo omwisuka Abusaalomu. 22Awo Yowaabu n'a vuunama amaiso ge, ni yeeyanzya, ne yeebalya kabaka: Yowaabu n'atumula nti watyanu omwidu wo amaite nga ŋanjire mu maiso go, mukama wange, ai kabaka, kubanga kabaka akolere omwidu we ky'amwegayiriire.23Awo Yowaabu n'a golokoka n'a yaba e Gesuli n'a leeta Abusaalomu e Yerusaalemi. 24Kabaka n'a tumula nti aireyo mu nyumba ye iye, yeena aleke okubona amaiso gange. Awo Abusaalomu n'a irayo mu nyumba ye, n'a tabona maiso ga kabaka.25Awo mu Isiraeri yenayena temwabbaire n'o mumu wo kutenderezebwa nga Abusaalomu olw'o busa bwe: okuva ku bigere bye wansi okutuuka ku bwezinge bw'o mutwe gwe nga bulaku kabbiibi. 26Awo bwe yasalanga enziiri gye, (era buli mwaka bwe gwawangaku n'a gisalanga: kubanga, gyamuzitoowereranga kyeyaviire agisala:) n'a pima enziiri egy'o ku mutwe gwe ni gibba sekeri bibiri, ng'o kupima kwa kabaka bwe kwabbaire. 27Awo Abusaalomu n'azaalirwa abaana ab'o bwisuka basatu n'o w'o buwala mumu, eriina lye Tamali: yabbaire mukali wa maiso masa.28Awo Abusaalomu n'a mala emyaka ibiri emirambirira mu Yerusaalemi; n'a tabona maiso ga kabaka. 29Awo Abusaalomu n'a tumya Yowaabu, okumutuma eri kabaka; naye n'a takiirirya kwiza gy'ali: awo n'atumya ate omulundi ogw'okubiri, naye n'a taikirirya kwiza.30Kyeyaviire akoba abaidu be nti bona, enimiro ya Yowaabu eriraine n'e yange, era alina sayiri eyo; mwabe mugyokye. Awo abaidu ba Abusaalomu ni bookya enimiro. 31Awo Yowaabu kaisi n'a golokoka n'a iza eri Abusaalomu mu nyumba ye n'a mukoba nti Abaidu bo bookyeirye ki enimiro yange?32Abusaalomu n'a iramu Yowaabu nti bona nakutumiire nga ntumula nti iza wano, nkutume eri kabaka okutumula nti ngiziriire ki okuva e Gesuli? mba kubba eyo ne watyanu kyandibaire kisa gye ndi: kale mbone amaiso ga kabaka; era oba nga mulimu obutali butuukirivu mu nze, angite. 33Awo Yowaabu n'a iza eri kabaka n'a mukobera: awo bwe yayetere Abusaalomu, n'a iza eri kabaka, n'a vuunama amaiso ge mu maiso ga kabaka: kabaka n'a nywegera Abusaalomu.
1Awo olwatuukire oluvanyuma lw'ebyo Abusaalomu ni yeetegekera eigaali n'e mbalaasi n'a basaiza ataano okwirukiranga mu maiso ge. 2Abusaalomu n'a golokokanga mu makeeri n'a yemerera ku ngira eya wankaaki: awo olwatuukire omuntu yenayena bwe yabbanga n'e nsonga eyabbaire ey'o kwiza eri kabaka okusalirwa omusango, awo Abusaalomu n'a mwetanga n'a mukoba nti oli w'oku kyalo ki? N'atumula nti omwidu wo we kika kimu kya Isiraeri.3Abusaalomu n'a mukoba nti bona, ebigambo byo bisa bye nsonga; naye wabula muntu kabaka gw'atakiirye okukuwulira. 4Abusaalomu n'a tumulanga era nti singa nze nfuuliibwe mulamuli mu nsi, buli muntu alina ensonga yonayona oba musango aizenga gye ndi, nzena nandimukoleire eby'e nsonga!5Awo olwatuukire omuntu yenayena bwe yasemberanga okumweyanzya, n'a gololanga omukono gwe n'a mukwataku n'a munywegera. 6Awo atyo Abusaalomu bwe yakolanga Isiraeri yenayena abaizanga eri kabaka okusalirwa emisango: awo Abusaalomu n'abba atyo emyoyo gy'a basaiza ba Isiraeri.7Awo olwatuukire emyaka ana bwe gyaweire Abusaalomu n'a koba kabaka nti nkwegayiriire njabe nsasule obweyamu bwange, bwe neeyamiire Mukama, e Kebbulooni. 8Kubanga omwidu wo yeeyamire obweyamu bwe nabbaire nga ntyama e Gesuli mu Busuuli, nga ntumula nti Mukama bw'a lingiriryayo dala e Yerusaalemi, kale ndiweererya Mukama.9Kabaka n'a mukoba nti Yaba mirembe. Awo n'a golokoka n'a yaba e Kebbulooni. 10Naye Abusaalomu n'atuma ababaka okubunya ebika byonabyona ebya Isiraeri ng'a tumula nti bwemwawulira eidoboozi ly'e ikondeere kaisi ni mutumula nti Abusaalomu niiye kabaka e Kebbulooni .11Era ne waaba n'Abusaalomu abasaiza bibiri abaaviire e Yerusaalemi, abaayeteibwe ni baaba nga tebamanyiriire; so tebaategeera kigambo kyonakyona. 12Awo Abusaalomu n'a tumya Akisoferi Omugiro, eyateesyanga ebigambo n'o Dawudi, okuva mu kibuga kye, e Giro, ng'a waayo sadaaka. Okwekoba okwo ni kubba n'a maani; kubanga abantu beeyongerayongeranga buliijo ababbaire n'o Abusaalomu.13Awo ne waiza omubaka eri Dawudi ng'a tumula nti emyoyo gy'a basaiza ba Isiraeri gisengereirye Abusaalomu. 14Awo Dawudi n'a koba abaidu be bonabona ababbaire naye e Yerusaalemi nti tugolokoke twiruke; bwe tutairuke tewaabbeewo ku ife eyawona Abusaalomu: Mwanguwe okwaba, aleke okututuukaku amangu n'atuleetaku akabbiibi, n'a ita ekibuga n'o bwogi bw'e kitala. 15Awo abaidu ba kabaka ni bakoba kabaka nti bona, abaidu bo beetekereteekere okukola kyonakyona mukama wange kabaka kyeyataka.16Kabaka n'a fuluma n'a b'o mu nyumba ye bonabona ni bamuusengererya. Kabaka n'a leka abakali ikumi abazaana okukuuma enyumba. 17Awo kabaka n'a fuluma, abantu bonabona ni bamusengererya; ni babba e Besu-meraki. 18Abaidu be bonabona ne bamubitaku ku mbali; n'Abakeresi bonabona n'Abaperesi bonabona n'Abagitti bonabona, abasaiza lukaaga abamusengereirye okuva e Gaasi, ne babita mu maiso ga kabaka.19Awo kabaka n'a koba Itayi Omugiti nti wena oyabira ki naife? Irayo obbe n'o kabaka: kubanga oli mugeni era eyabbingiibwe; irayo ewuwo iwe. 20Iwe eyaizire olwe izo, nandikutambwirye eruuyi n'e ruuyi wamu naife watyanu, kubanga nze njaba gyensobola okwaba? Irayo, oiryeeyo n'a bagande bo; okusaasira n'a mazima bibbe naiwe.21Itayi n'a iramu kabaka n'a tumula nti Mukama nga bw'ali omulamu n'o mukama wange kabaka nga bw'ali omulamu, mazima mu kifo kyonakyona mukama wange kabaka weyabbanga, oba okufa oba okubba mulamu, eyo n'o mwidu wo gyeyabbanga. 22Awo Dawudi n'a koba Itayi nti yaba osomoke. Itayi Omugitti n'a somoka n'a basaiza be bonabona n'a baana abatobato bonabona ababbaire naye. 23Ensi yonayona ni bakunga n'e idoboozi inene, abantu bonabona ni basomoka: n'o kabaka yena n'a somoka akaiga Kidulooni, abantu boona ni basomokera awali engira eira mu idungu.24Awo, bona, Zadooki yena n'a iza n'Abaleevi bonabona nga bali naye, nga basitula esanduuku ey'e ndagaanu ya Katonda; ni bateeka esanduuku ya Katonda, Abiyasaali n'a yambuka Okutuusya abantu bonabona lwe baamalire okuva mu kibuga. 25Kabaka n'a koba Zadooki nti Situla esanduuku ya Katonda ogiiryeyo mu kibuga: bwe ndibona ekisa mu maiso ga Mukama, alingiryawo, aligindaga iyo era n'e nyumba ye: 26yena bw'alitumula atyo nti tinkusanyukira n'a kadiidiiri; bona, ninze ono, ankole nga bw'a siima.27Era kabaka n'a koba Zadooki kabona nti iwe toli muboni? Irayo mu kibuga mirembe, na bataane bo bombiri weena, Akimaazi mutaane wo n'o Yonasaani mutaane wa Abiyasaali. 28bona, nze ndirindirira ku misomoko egy'o mu idungu okutuusya ekigambo lwe kiriva gye muli okuntegeezya. 29Awo Zadooki n'o Abiyasaali ne basitula esanduuku ya Katonda ni bagiirya e Yerusaalemi: ni babba eyo.30Awo Dawudi n'a niina awayambukirwa ku lusozi olw'e mizeyituuni, n'a kunga amaliga ng'a niina; era yabbaire yeebiikire omutwe ng'a bula ngaito: n'abantu bonabona ababbaire naye ne beebiika buli muntu omutwe ni baniina, nga bakunga amaliga nga baniina. 31Ni wabbaawo eyakobeire Dawudi nti Akisoferi ali mu ibo abeekobaine n'Abusaalomu. Dawudi n'a tumula nti nkwegayiriire, Ai Mukama, fuula okuteesya kwa Akisoferi okubba obusirusiru.32Awo olwatuukire Dawudi bwe yatuukire ku ntiiko awaniinisirwa, kwe bayemanga okusinza Katonda, bona, Kusaayi Omwaluki n'a iza okumusisinkana ng'a kanwire ekizibawo kye n'e itakali nga liri ku mutwe gwe: 33Dawudi n'a mukoba nti bwewabita nanze, wanzitoowerera: 34naye bwewairayo mu kibuga n'o koba Abusaalomu nti ninze nabbanga omwidu wo, ai kabaka; nga bwe nabbanga omwidu wa itaawo mu biseera eby'e ira, ntyo bwe naabbanga omwidu wo atyanu: kale wangitira okuteesya kwa Akisoferi.35Era toniina eyo wamu naiwe Zadooki n'Abiyasaali bakabona? awo olwatuukanga buli kigambo kyonakyona kyewawuliranga okuva mu nyumba ya kabaka, wakikoberanga Zadooki n'o Abiyasaali bakabona. 36bona, balina eyo gye bali bataane baabwe bombiri. Akimaazi mutaane wa Zadooki n'o Yonasaani mutaane wa Abiyasaali; era abo be mwantumiranga okuntegeeza buli kigambo kye mwawuliranga. 37Awo Kusaayi mukwanu gwa Dawudi n'ayingira mu kibuga; Abusaalomu n'ayingira mu Yerusaalemi.
1Awo Dawudi bwe yabbaire ng'abitire ku ntiko awayambukirwa eibbanga itono, bona, Ziba omwidu wa Mefibosesi n'asisinkana naye ng'alina endogoyi ibiri egiriku amatandiiko, nga gyetiikire emigaati bibiri n'e biyemba eby'e izabbibu enkalu kikumi, n'e by'e bibala eby'e kyeya kikumi, n'ekideku ky'o mwenge. 2Kabaka n'a koba Ziba nti Bino amakulu gaabyo ki? Ziba n'a tumula nti endogoyi gyaba mu nyumba ya kabaka okwebagalanga; n'e migaati n'e bibala eby'e kyeya bya baisuka okulya; n'o mwenge abaliyongobera mu idungu banywe.3Kabaka n'a tumula nti N'o mwana wa mukama wo ali waina? Ziba n'a koba kabaka nti bona, abba e Yerusaalemi: kubanga atumwire nti watynu enyumba ya Isiraeri erinzirirya obwakabaka bwa itawange. 4Awo kabaka n'a koba Ziba nti bona, ebya Mefibosesi byonabyona bibyo. Ziba n'a tumula nti neyanzirye; ŋanje mu maiso go, mukama wange, ai kabaka.5Awo kabaka Dawudi bwe yatuukire e Bakulimu, bona, ni mufuluma omwo Omusaiza ow'o ku nda y'e nyumba ya Sawulo, eriina lye Simeeyi, mutaane wa Gera: n'a fuluma n'aiza, n'alaama ng'a iza ng'a laama. 6N'akasuukirira Dawudi amabbaale n'a baidu bonabona aba kabaka Dawudi: n'a bantu bonabona n'a basaiza bonabona ab'a maani babbaire ku mukono gwe omulyo n'o ku mugooda.7Awo Simeeyi n'a tumula atyo bwe yalaamire nti Vaawo; vaawo, iwe Omusaiza ow'o musaayi, era Omusaiza wa Beriali: 8Mukama airirye ku iwe omusaayi gwonagwona ogw'e nyumba ya Sawulo, mu kifo kye mw'oyema okufuga; era Mukama awaireyo obwakabaka mu mukono gwa Abusaalomu mutaane wo: era, bona, oteegeibwe mu lukwe lwo iwe, kubanga oli musaiza wo musaayi.9Awo Abisaayi mutaane wa Zeruyiya n'a koba kabaka nti Embwa eno enfu ekyabba kimulamisirye mukama wange kabaka kiki? nsomoke, nkwegayiriire, mutooleku omutwe. 10Kabaka n'a tumula nti nfaayo ki eri imwe, imwe bataane ba Zeruyiya? Kubanga alaama era kubanga Mukama amukobere nti laama Dawudi; kale yatumula nti Kiki ekikukoleserye otyo?11Dawudi n'a koba Abisaayi n'a baidu be bonabona nti bona, mutaane wange eyaviire mu ntumbu gyange asagira obulamu bwange: Omubenyamini oyo taasinge inu? mumuleke alaame; kubanga Mukama amulagiire. 12Koizi Mukama yalingirira ekibbiibi ekinkoleirwe, era Mukama alinsasula okusa olw'o kunaama atyanu.13Awo Dawudi n'a basaiza be ne batambula mu ngira: Simeeyi n'ayeta ku lusozi okumwolekera, n'alaama ng'a yaba, n'a mukasuukirira amabbaale n'a yiwa enfuufu. 14Kabaka n'a bantu bonabona ababbaire naye ni baiza nga bakoowere; n'a weereraweerera eyo.15Awo Abusaalomu n'a bantu bonabona abasaiza ba Isisaeri ni baiza e Yerusaalemi n'o Akisoferi wamu naye. 16Awo olwatuukire Kusaayi Omwaluki, mukwanu gwa Dawudi, bwe yaizire eri Abusaalomu, Kusaayi n'a koba Abusaalomu nti Kabaka abbe omulamu, kabaka abbe omulamu.17Abusaalomu n'a koba Kusaayi nti Kino niikyo ekisa kyo eri mukwanu gwo? ekyakulobeire okwaba n'o mukwanu gwo kiki? 18Kusaayi n'a koba Abusaalomu nti Bbe; naye oyo Mukama n'a bantu bano n'a basaiza ba Isiraeri bonabona gwe balodere n'abbanga wuwe era n'abbanga naye.19Era ate nandiweereirye yani? Tinandiwereirye mu maiso g'o mwana we? nga bwe naweerereryanga mu maiso ga itaawo, ntyo bwe nabbanga mu maiso go.20Awo Abusaalomu n'akoba Akisoferi nti Sala amagezi bwe tubba tukola. 21Akisoferi n'a koba Abusaalomu nti yingira eri abazaana ba itaaye b'alekere okukuuma enyumba: awo Isiraeri yenayena baliwulira nga itaawo akutamiirwe: awo emikono gya bonabona ababbaire naiwe kaisi ni gibba n'a maani.22Awo ni bamutimbira Abusaalomu eweema waigulu ku nyumba; Abusaalomu n'a yingira eri abazaana ba itaaye mu maiso ga Isiraeri yenayena. 23N'okuteesya kwa Akisoferi, kwe yateesyanga mu biseera ebyo, kwabbanga ng'o muntu bw'a buulya awali ekigambo kya Katonda: kutyo bwe kwabbanga okuteesya kwonakwona okwa Akisoferi eri Dawudi era n'eri Abusaalomu.
1Era ate Akisoferi n'a koba Abusaalomu nti ka nonde abasaiza mutwaalo gumu mu nkumi ibiri ngolokoke nsengererye Dawudi obwire buno: 2era namutuukaku ng'a koowere n'e mikono gye nga minafu ni mutiisya: n'a bantu bonabona ababbaire naye bairukire; era nakubba kabaka yenka: 3n'a bantu bonabona nabairyawo gy'oli: omusaiza gw'osagira kyekankana bonabona nga abairirewo: kale abantu bonabona balibba mirembe. 4Ekigambo ekyo Abusaalomu n'akisiima inu n'abakaire ba Isiraeri bonabona.5Awo Abusaalomu n'atumula nti njetera n'o Kusaayi Omwaluki, tuwulire era iye ky'e yatumula. 6Awo kusaayi ng'a izire eri Abusaalomu, Abusaalomu n'a mukoba nti Akisoferi atumwire atyo: twakola nga bw'a tumwire? oba nga ti niiwo awo, tumula iwe. 7Awo Kusaayi n'akoba Abusaalomu nti okuteesya Akisoferi kw'aleetere omulundi guno ti kusa.8Era ate Kusaayi n'a tumula nti omaite itaawo n'a basaiza be nga basaiza ba maani, era nga baliku obusungu mu myoyo gyabwe, ng'e idubu erinyagiibweku abaana baayo ku itale: era itaawo musajja mulwani, so taligona na bantu. 9Bona, atyanu yegisire mu bwina oba wandi: awo olwatuuka bwe wabbaawo ku ibo abamu abagwa oluberyeberye, buli eyawulira yatumula nti wabbairewo okwitibwa kungi mu bantu abasengererya Abusaalomu. 10Awo era n'o muzira alina omwoyo oguli sooti omwoyo gw'e mpologoma, aliyongoberera dala: kubanga Isiraeri yenayena bamaite itaawo nga musaiza wa maani, boona abali naye nga basaiza bazira.11Naye nze nkuwa amagezi okukuŋaanya gy'oli Isiraeri yenayena, okuva ku Daani okutuuka e Beeruseba, ng'o musenyu oguli ku itale ly'e nyanza obusa; wena mwene otabaale. 12Awo tulimusanga mu kifo walibonekera, naife tulimugwaku ng'o musulo bwe gugwa ku itakali: naye n'abasaiza bonabona abali naye te itulisigalyaku n'o mumu.13Era ate bw'alibba nga ayabire mu kibuga, kale Isiraeri yenayena alireeta emiguwa eri ekibuga ekyo, ne tukiwalulira mu mwiga, okutuusya lwe watalibonekayo kabbaale n'akamu. 14Awo Abusaalomu n'abasaiza ba Isiraeri bonabona ne batumula nti Okuteesya kwa Kusaayi Omwaluki kusingire okuteesya kwa Akisoferi. Kubanga Mukama yabbaire ateekerewo okwita okuteesya okusa okwa Akisoferi, Mukama Kaisi aleete obubbiibi ku Abusaalomu.15Awo Kusaayi n'a koba Zadooki n'Abiyasaali bakabona nti atyo n'atyo Akisoferi bw'a waire amagezi Abusaalomu n'abakaire ba Isiraeri: nzena muwaire amagezi ntyo na ntyo. 16Kale mutume mangu mubuulire Dawudi nti Togona bwire buno ku misomoko egy'o mu idungu, naye toleka kusomoka; kabaka aleke okumalibwawo n'a bantu bonabona abali naye.17Era Yonasaani n'Akimaazi ni babba ku Enerogeri; omuzaana n'a yabanga n'a babuulira; ni baaba ne babuulira kabaka Dawudi: kubanga tibandiyinzire kuboneka nga bayingira mu kibuga. 18Naye omwisuka n'a babona n'a kobera Abusaalomu: ni baaba bombiri mangu ni baiza mu nyumba ey'o musaiza e Bakulimu, eyabbaire n'e nsulo mu luya lwe; ne baika omwo.19Omukali n'a irira ekisaanikira n'akisaanikira ku munwa gw'e nsulo, n'afukaku eŋaanu ensekule; so wabula kigambo kya manyiibwe. 20Awo abaidu ba Abusaalomu ni baiza eri omukali mu nyumba; ne batumula nti Akimaazi n'o Yonasaani bali waina? Omukali n'a bakoba nti Basomokere akaiga ak'a maizi. Awo bwe baamalire okubasagira ni batasobola kubabona, ni bairayo e Yerusaalemi.21Awo olwatuukire nga baamalire okwaba ni baniina ne bava mu nsulo ne baaba ne bakobera kabaka Dawudi: ne bakoba Dawudi nti mugolokoke musomoke amaizi mangu: kubanga gano niigo magezi Akisoferi g'abasaliire. 22Awo Dawudi n'a golokoka n'a bantu bonabona ababbaire naye ne basomoka Yoludaani: mu ngamba bwe yasalire nga tikugotereku n'o mumu ku ibo akaali kusomoka Yoludaani.23Awo Akisoferi bwe yaboine nga tebakwaite kigambo kyategekere, n'a teeka amatandiiko ku ndogoyi ye n'agolokoka n'a irayo eika mu kibuga kye, n'alongoosya enyumba ye, ni yeetuga; n'afa ni bamuziika mu magombe ga itaaye.24Awo Dawudi n'aiza e Makanayimu. Abusaalomu n'a somoka Yoludaani, iye n'a basaiza ba Isiraeri bonabona wamu naye. 25Abusaalomu n'afuula Amasa omukulu w'e igye mu kifo kya Yowaabu. Era Amasa yabbaire mwana wo musaiza eriina lye Isira Omuisiraeri eya yingiire eri Abbigayiri muwala wa Nakasi, mugande wa Zeruyiya maye wa Yowaabu. 26Awo Isiraeri n'Abusaalomu ne basiisira mu nsi ye Gireyaadi.27Awo olwatuukire Dawudi bwe yatuukire e Makanayimu, Sobi Mutaane wa Nakasi ow'e Labba eky'a baana ba Amoni n'o Makiri mutaane wa Amiyeri ow'e Lodebali n'o Baluzirayi Omugireyaadi ow'e Logerimu, 28ne baleeta ebitanda, n'e bibya, n'e ntamu, n'e ŋaanu, n'e sayiri, n'o bwita, n'e ŋaanu ensiike, n'e bijanjaalo, n'e mpindi, n'e mpokya ensiike, 29n'o mubisi gw'e njoki, n'o muzigo, n'e ntama, n'a mata g'e nte amakalu, nga bamuleetera Dawudi n'a bantu ababbaire naye okulya: kubanga batumwire nti Abantu balumirwe enjala era bakoowere era balumirwe enyonta mu idungu.
1Awo Dawudi n'a bona abantu ababbaire naye n'abateekaku abaami b'e nkumi n'a baami b'e bikumi. 2Dawudi n'a gaba eigye, ekitundu eky'o kusatu nga kiri wansi w'o mukono gwa Yowaabu n'e kitundu eky'o kusatu nga kiri wansi w'o mukono gwa Abisaayi mutaane wa Zeruyiya, mugande wa Yowaabu, n'e kitundu eky'o kusatu nga kiri wansi w'o mukono gwa Itayi Omugiiti. Kabaka n'a koba abantu nti nzena mwene tinaleke kutabaala naimwe.3Naye abantu ni batumula nti tootabaale iwe: kubanga ife bwe twairuka tebateekeyo mwoyo eri ife; so ife bwe twafaaku ekitundu kyaisu, tebateekeyo mwoyo eri ife: naye iwe ku ife wekankana mutwaalo omuwendo: kale ekisinga obusa weeteeketeeke okutwirukirira ng'oyema mu kibuga. 4Kabaka n'abakoba nti kye musiima kye mwakola. Kabaka n'a yemerera ku mbali kw'o mulyango, abantu bonabona ni bafuluma ebikumi n'e nkumi.5Awo kabaka n'alagira Yowaabu na Abisaayi n'o Itayi ng'a tumula nti mu mukwata mpola ku lwange omwisuka, Abusaalomu. Abantu bonabona ni bawulira kabaka bwe yalagiire abaami bonabona ebigambo bya Abusaalomu.6Awo abantu ni batabaala okulwana n'o Isiraeri: olutalo ni lubba mu kibira kya Efulayimu. 7Awo abantu ba Isiraeri ni babbingibwa eyo mu maiso g'a baidu ba Dawudi, ni wabba eyo ku lunaku olwo okwitibwa kungi okw'a basaiza ab'e mitwalo ibiri. 8Kubanga olutalo lwabunire eyo ensi yonayona: ekibira ni kiita abantu bangi ku lunaku olwo okusinga ekitala be kyaitire.9Awo Abusaalomu yabbaire ali awo n'a sisinkana n'a baidu be Dawudi. Abusaalomu ne yeebagala enyumbu ye, enyumbu n'e bita wansi w'a matabi amaziyivu ag'o mwera omunene, omutwe gwe ni gukwata ku mwera, n'a situlibwa wakati w'e igulu n'e nsi; enyumbu gye yabbaire yeebagaire n'e tambula mu maiso. 10Ni wabba omusaiza eyakiboine n'a kobera Yowaabu n'a tumula nti bona, mboine e Abusaalomu ng'a wanikiibwe ku mwera. 11Yowaabu n'a koba Omusaiza eyamukobeire nti okubona okiboine, kale kiki ekikulobeire okumukubbira eyo wansi? nzena nandikuwaire ebitundu ebye feeza ikumi n'o lukoba.12Omusaiza n'a koba Yowaabu nti waire nga njaba okuweebwa mu ngalo gyange ebitundu eby'e feeza olukumi, naye tinandigololeire mukono gwange ku mwana wa kabaka: kubanga twabbaire tuwulira kabaka n'a lagira iwe na Abisaayi n'o Itayi ng'a tumula nti mwekuume waleke okubbaawo eyakoma ku mwisuka Abusaalomu. 13Naye singa nkolere eby'o bubbeyi okwita obulamu bwe, (so wabula kigambo ekigisibwa kabaka,) kale iwe mwene wandyetoireyo.14Awo Yowaabu n'a tumula nti tinsobola kutootatoota naiwe ntyo. N'a irira obusaale busatu mu ngalo gye n'a bumusumita Abusaalomu mu mwoyo, bwe yabbaire ng'a kaali mulamu wakati mu mwera. 15N'abaisuka ikumi abaatwalanga ebyokulwanisya ebya Yowaabu ne bazingizya Abusaalomu ni bamusumita ne bamwita.16Awo Yowaabu n'afuuwa eikondeere abantu ne bairawo okusengererya Isiraeri: kubanga Yowaabu yabazikiriirye. 17Ne batwala Abusaalomu ni bamusuula mu bwina budi obunene mu kibira, ni bamutuumaku entuumu y'a mabbaale nene inu: awo Isiraeri yenayena ni bairukira buli muntu mu weema ye.18Era Abusaalomu bwe yabbaire ng'a kaali mulamu yairiire empango eri mu kiwonvu kya kabaka n'a gyesimbira: kubanga yatumwire nti mbula mwana kwe baliijuukirira eriina lyange: n'ayeta empnago eriina lye iye bwe lyabbaire: era eyetebwa kiijukiryo kya Abusaalomu ne watynu.19Awo Akimaazi mutaane wa Zadooki n'a tumula nti Ka ngiruke atyanu ntwalire kabaka ebigambo Mukama bw'a muwalaniire eigwanga ku balabe be. 20Yowaabu n'a mukoba nti Tootwale bigambo atyanu, naye olibitwala olundi: naye atyanu tootwale bigambo, kubanga omwana wa kabaka afiire.21Awo Yowaabu n'a koba Omukusi nti yaba okobere kabaka byoboine. Omukusi n'a kutamira Yowaabu n'a iruka. 22Awo Akimaazi mutaane wa Zadooki ne yeeyongera okukoba Yowaabu omulundi ogw'o kubiri nti kamale gairuka nanze, nkwegayiriire, nsengererye Omukusi. Yowaabu n'a tumula nti otakira ki okwiruka; mwana wange, ataaweebwe mpeera olw'e bigambo? 23(N'atumula nti) Naye ke male gairuka. N'amukoba nti Iruka. Awo Akimaazi n'airukira mu ngira ery'Olusenyu nabitya Omukusi.24Awo Dawudi yabbaire atyaime wakati w'e miryango ibiri: omukuumi n'a niina waigulu ku wankaaki ku bugwe, n'a yimusya amaiso ge n'alinga, kale, bona, omusaiza ng'a iruka yenka. 25Omukuumi n'a tumulira waigulu n'a kobera kabaka. Kabaka n'a tumula nti oba ng'ali mumu, aleetere ebigambo mu munwa gwe. N'a yanguwa okwiza n'a sembera kumpi.26Omukuumi n'a bona omusaiza ow'o kubiri ng'a iruka: omukuumi n'akoowoola omwigali n'a tumula nti bona, omusaiza ow'o kubiri ng'a iruka yenka. Kabaka n'a tumula nti era naye aleetere ebigambo. 27Omukuumi n'a tumula nti ndowooza ng'e ngiruka y'oyo atangiire eriŋanga engiruka ya Akimaazi mutaane wa Zadooki. Kabaka n'a tumula nti niiye musaiza omusa n'e bigambo by'a izire nabyo bisa.28Akimaazi n'a koowoola n'akoba kabaka nti Mirembe. N'avuunama amaiso ge mu maiso ga kabaka n'atumula nti Atenderezebwe Mukama Katonda wo, awaireyo abasaiza abagololeire omukono gwabwe ku mukama wange kabaka. 29Kabaka n'atumula nti Omwisuka Abusaalomu aliyo mirembe? Akimaazi n'a iramu nti Yowaabu bwe yatumwire omwidu wa kabaka, nze omwidu wo, naboine oluyoogaano olunene, naye ne ntamanya bwe lwabaire. 30Kabaka n'a tumula nti weekooloobye oyemerere eno. Ni yeekooloobya n'ayemerera bwemereri.31Kale, bona, Omukusi n'aiza; Omukusi n'a tumula nti ndekeire mukama wange kabaka ebigambo: kubanga Mukama awalanire eigwanga lye atyanu ku abo bonabona abakugolokokeireku. 32Kabaka n'a koba, Omukusi nti omwisuka Abusaalomu aliyo mirembe? Omukusi n'a iramu nti Abalabe ba mukama wange kabaka n'abo bonabona abakugolokokeireku okukukola akabbiibi babbe ng'o mwisuka oyo bw'ali. 33Awo kabaka ni yeeraliikirira inu n'a niina n'ayaba mu nyumba edi ku wankaaki n'a kunga amaliga: awo ng'a yaba n'atumula atyo nti Ai, mwana wange Abusaalomu, mwana wange, mwana wange Abusaalomu! singa nkufiiriire, ai Abusaalomu, mwana wange, mwana wange!
1Awo ne bakobera Yowaabu nti bona, kabaka akunga amaliga akungubagira Abusaalomu. 2Awo ku lunaku olwo okuwangula ni kufuuka okukungubaga eri abantu bonabona: kubanga abantu ni bawulira nga batumula ku lunaku olwo nti Kabaka anakuwaliire mutaane we.3Awo abantu ni baira mu kibuga ku lunaku olwo nga bajooma, ng'a bantu abakwaatiibwe ensoni bwe bajoomere nga bairukire mu lutalo. 4Kabaka n'abiika ku maiso ge, kabaka n'a kunga n'e idoboozi inene nti mwana wange Abusaalomu, ai Abusaalomu, mwana wange, mwana wange!5Awo Yowaabu n'a yingira mu nyumba eri kabaka, n'atumula nti Oswazirye watyanu amaiso g'a baidu bo bonabona, abawonyerye atyanu obulamu bwo n'o bulamu bwa bataane bo na bawala bo n'o bulamu bwa bakali bo n'o bulamu bw'a bazaana bo; 6kubanga otaka abakukyawa n'o kyawa abakutaka. Kubanga oyatwire atyanu ng'a bakulu n'a baidu ti kintu gy'oli: kubanga watyanu ntegeire, singa Abusaalomu abaire mulamu naife fenafena nga tufiire watyanu, kale wandikisiimire inu.7Kale golokoka ofulume otumule n'a baidu bo kusa: kubanga ndayira Mukama, bw'otoofulume, tiwabbe naiwe obwire buno omusaiza n'o mumu: n'ekyo kirisinga obubbiibi enaku gyanagyona gye wakabona okuva mu butobuto bwo ne atyanu. 8Awo kabaka n'a golokoka n'a tyama mu mulyango. Ni bakobera abantu bonabona nti bona, kabaka atyaime mu mulyango: abantu bonabona ni bakiikira kabaka. Awo Isiraeri yabbaire airukiire buli muntu mu weema ye.9Abantu bonabona ni babba nga bawakana mu bika bya Isiraeri byonabyona nga batumula nti Kabaka niiye yatuwonyerye mu mukono gw'a balabe baisu, n'a tulokola mu mukono gw'Abafirisuuti; kale atyanu airukire Abusaalomu okuva mu nsi. 10N'o Abusaalomu gwe twafukireku amafuta okutufuga afiiriire mu lutalo. Kale kiki ekibaloberya okutumula ekigambo eky'o kwiryawo kabaka?11Awo kabaka Dawudi n'atumira Zadooki n'o Abiyasaali bakabona ng'a tumula nti mwabe Abakaire ba Yuda nti kiki ekibalwisya imwe okusinga bonabona okwiryawo kabaka mu nyumba ye? kubanga ebigambo bya Isiraeri yenayena bituukire eri kabaka, okumuleeta mu nyumba ye. 12Imwe muli bagande bange, imwe muli magumba gange n'o mubiri gwange: kale kiki ekibalwisya okusinga bonabona okwiryawo kabaka? Era mukobe Amasa nti Toli magumba13Era mukobe Amasa nti Toli magumba gange n'o mubiri gwange? Katonda ankole atyo n'o kusingawo, oba nga tolibba mukulu w'e igye mu maiso gange enaku gyonagona mu kifo kya Yowaabu. 14N'akutamya emyoyo gy'a basaiza bonabona aba Yuda ng'o mwoyo gw'o muntu omumu; n'o kutuma ni batumira kabaka nga batumula nti Irawo iwe n'a baidu bo bonabona. 15Awo kabaka n'a irawo n'aiza ku Yoludaani. Abayuda ni baiza e Girugaali okwaba okusisinkana n'o kabaka, okusomokya kabaka Yoludaani.16Awo Simeeyi mutaane wa Gera, Omubenyamini ow'e Bakulimu n'a yanguwa n'a serengeta wamu n'a basaiza ba Yuda okusisinkana n'o kabaka Dawudi. 17Era ni wabba naye abasaiza lukumi aba Benyamini, n'o Ziba omwidu w'e nyumba ya Sawulo n'a bataane be ikumi na bataanu n'a baidu be abiri nga bali naye; ni basomoka Yoludaani kabaka nga aliwo. 18Eryato ni liwunguka okuwungula ab'o mu nyumba ya kabaka n'o kukola nga bweyasiimire. Simeeyi mutaane wa Gera n'a vuunamira kabaka ng'a somokere Yoludaani.19N'akoba kabaka nti Mukama wange aleke okunteekaku obutali butuukirivu, so toijukira ekyo omwidu wo kye y'akolere ng'a kola ekyeju ku lunaku mukama wange kabaka lwe yaviire mu Yerusaalemi, kirumire omwoyo kabaka. 20Kubanga omwidu wo amaite nga nayonoonere: bona, kyenviire ngiza atyanu nga ninze nsokere enyumba yonayona eya Yusufu okuserengeta okusisinkana n'o mukama wange kabaka.21Naye Abisaayi mutaane wa Zeruyiya n'a iramu n'a tumula nti Simeeyi taitibwe olwa kino kubanga yakolimiire oyo Mukama gwe yafukireku amafuta? 22Dawudi n'a tumula nti nfaayo ki eri imwe, imwe bataane ba Zeruyiya, imwe okubba watyanu abalabe bange? wabbaawo eyaitibwa atyanu mu Isiraeri? kuba timaite nga ndi kabaka wa Isiraeri atyanu? 23Kabaka n'a koba Simeeyi nti toofe. Kabaka n'a mulayirira.24Awo Mefibosesi mutaane wa Sawulo n'a serengeta okusisinkana n'o kabaka; era yabbaire tanaabanga bigere waire okumwa ebirevu waire okwoza engoye gye okuva ku lunaku kabaka lwe yayabiireku okutuusya ku lunaku lwe yairirewo emirembe. 25Awo olwatuukire bwe yatuukire e Yerusaalemi okusisinkana n'o kabaka, kabaka n'a mukoba nti kiki ekyakulobeire okwaba nanze, Mefibosesi?26N'atumula nti Mukama wange, ai kabaka, omwidu wange yambeyere: kubanga omwidu wo yatumwire nti nateekere amatandiiko ku ndogoyi ngyebagale njabe n'o kabaka; ku banga omwidu wo muleme. 27Era yawaayirizirye omwidu wo eri mukama wange kabaka; naye mukama wange kabaka ali sooti malayika wa Katonda: kale kola ekiri mu maiso go ekisa. 28Kubanga enyumba yonnayona eya itawange babbaire bafu bufu mu maiso ga mukama wange kabaka: naye n'otyamisya omwidu wo mu ibo abalya ku meenza yo iwe. Kale nina nsonga ki neeyongeire okukungira kabaka?29Kabaka n'a mukoba nti ekikutumulya ki ate ku bigambo byo? Nze ntumula nti iwe n'o Ziba mugabane ensi. 30Mefibosesi n'a koba kabaka nti Niiwo awo, atwale byonabyona, kubanga mukama wange kabaka atuukire mirembe mu nyumba ye iye.31Awo Baluzirayi Omugireyaadi n'a serengeta okuva e Logerimu; n'asomoka Yoludaani wamu n'o kabaka okumusomokya Yoludaani. 32Era Baluzirayi yabbaire musaiza mukaire inu, nga yaakamala emyaka kinaana: era yabbaire amuliisirye kabaka bwe yabbaire atyama e Makanayimu; kubanga yabbaire musaiza mukulu inu. 33Kabaka n'a koba Baluzirayi nti iza osomoke nanze, nzena ndikuliisirya wamu nanze mu Yerusaalemi.34Baluzirayi n'a koba kabaka nti enaku egy'e myaka egy'o bulamu bwange gyekankana wa, nyambuke n'o kabaka njabe e Yerusaalemi? 35Atyanu naakamala emyaka kinaana: nsobola okwawulamu ebisa n'e bibbiibi? omwidu we, awoomerwa bye ndya oba bye nywa? nkaali nsobola okuwulira eidoboozi ly'a basaiza abeemba n'a bakali abeemba? kale omwidu wo yandibbereire ki ate azitoowerera mukama wange kabaka? 36Omwidu wo ataka okusomoka Yoludaani obusomoki wamu n'o kabaka era olw'ekyo kabaka yandimpeereire ki empeera eyenkaniire awo?37Nkwegayiriire, omwidu wo aireyo ate afiire mu kibuga ky'e waisu, awali amagombe ga itawange no mawange. Naye, bona, omwidu wo Kimamu; oyo niiye abba asomoka n'o mukama wange kabaka; era omukolanga ky'olisiima.38Kabaka n'a iramu nti Kimamu yasomoka nanze, era ndimukola ky'olisiima: era kyonakyona ky'olitaka okunteekaku, ndikikukolera. 39Abantu bonabona ni basomoka Yoludaani kabaka n'a somoka: kabaka n'a nywegera Baluzirayi n'a musabira omukisa; n'airayo mu kifo kye iye.40Awo kabaka n'a somoka n'ayaba e Girugaali, Kimamu n'a somoka naye: abantu bonabona aba Yuda ni basomokya kabaka era n'e kitundu ky'a bantu ba Isiraeri. 41Awo, bona, abasaiza ba Isiraeri bonabona ni baiza eri kabaka ne bakoba kabaka nti bagande baisu abasajja ba Yuda bakubbiire ki, ni basomokya Yoludaani kabaka n'a b'o mu nyumba ye n'a basaiza ba Dawudi bonabona wamu naye?42Awo abasaiza ba Yuda bonabona ne bairamu abasaiza ba Isiraeri nti Kubanga kabaka atuli kumpi mu luganda: kale musunguwalira ki olw'e kigambo ekyo? twabbaire tuliire n'a katono ekintu kyonakyona ekya kabaka? oba atuwaire ekirabo kyonakyona? 43Awo abasaiza ba Isiraeri ni bairamu abasaiza ba Yuda ni batumula nti Ebitundu ikumi ebya kabaka byaisu, era ife tulina bingi mu Dawudi okusinga imwe: kale mwatunyoomeire ki obutasooka kubuulya ife nga muteesya naife okwiryawo kabaka waisu? Ebigambo eby'a basaiza ba Yuda ni bisinga obulalu ebigambo eby'a basaiza ba Isiraeri.
1Awo omusaiza wa Beriali yabbaire ali eyo, eriina lye Seba, mutaane wa Bikuli, Omubenyamini: n'a fuuwa eikondeere n'atumula nti mubula mugabo mu Dawudi so mubula busika mu mutaane wa Yese: mwire buli muntu mu weema gye, iwe Isiraeri. 2Awo abasaiza ba Isiraeri bonabona ni bairayo okuleka okusengererya Dawudi ni basengererya Seba mutaane wa Bikuli: naye abasaiza ba Yuda ni beegaita n'o kabaka waabwe, okuva ku Yoludaani okutuuka e Yerusaalemi.3Awo Dawudi n'aiza mu nyumba ye e Yerusaalemi; kabaka n'a twala abakali ikumi abazaana be, be yabbaire aleetere okukuuma enyumba, n'a bateeka mu ikomera n'a baliisyanga, naye n'a tayingira gye bali. Awo ne basibibwa okutuusya ku lunaku kwe bafiiriire nga babula ba ibawabwe.4Awo kabaka n'akoba Amasa nti njetera abasaiza ba Yuda bakuŋaane enaku isatu nga gikaali kubitawo, wena obbenga wano. 5Awo Amasa n'a yaba okukuŋaanya Yuda: naye n'amalire ebiseera okusinga bye yamuteekeirewo.6Dawudi n'a koba Abisaayi nti atyanu Seba mutaane wa Bikuli alitukola obubbiibi okusinga Abusaalomu bwe yakolere: twala abaidu ba mukama wo omusengererye aleke okwaba mu bibuga ebiriku enkomera n'a wona okuva mu maiso gaisu. 7Ne wafuluma okumusengererya n'a basaiza ba Yowaabu n'Abakeresi n'Abaperesi n'a basaiza bonabona Ab'a maani: ni bava mu Yerusaalemi okuyiganya Seba mutaane wa Bikuli.8Bwe batuukire ku ibbaale einene eriri mu Gibyoni, Amasa n'aiza okubasisinkana. Era Yowaabu yabbaire yeesibire ebivaalo bye eby'e ntalo bye yayambwire, era nga kuliku olukoba n'e kitala nga kisibiibwe mu nkende ye mu kiraatu kyakyo; awo ng'afuluma ni kisowokamu ni kigwa.9Yowaabu n'a koba Amasa nti oli mirembe, mugande wange? Yowaabu n'akwata Amasa ku kirevu n'o mukono gwe omulyo okumunywegera. 10Naye Amasa n'atateekayo mwoyo eri ekitala ekyabbaire mu mukono gwa Yowaabu: n'a musumitisya ekyo ekida n'ayiwa amadundu ge wansi n'atamusumita olwo kubiri; n'afa. Yowaabu n'Abisaayi mugande we ni bayiganya Seba mutaane wa Bikuli.11Awo ni wayemerera wadi omumu ku baisuka ba Yowaabu n'a tumula nti Ataka Yowaabu era ali ku luuyi lwa Dawudi asengererye Yowaabu. 12Era Amasa yabbaire agalamire nga yeekulukuunya mu musaayi gwe wabula mu luguudo. Awo omusaiza oyo bwe yaboine ng'a bantu bonabona bemereire bwemereri, n'a situla Amasa n'a mutoola mu luguudo n'a mutwala ku itale, n'a musuulaku ekivaalo, bwe yaboine buli amubitaku ng'a yemerera. 13Awo bwe yatooleibwe mu luguudo, abantu bonabona ni beeyongerayo nga batumulira Yowaabu, okuyiganya Seba mutaane wa Bikuli.14N'a tambula n'a bunya ebika byonabyona ebya Isiraeri n'a tuuka e Aberi ne Besumaaka n'a baberi bonabona ni bakuŋaana ne bamusengererya boona. 15Ni baiza ni bamuzingizya mu Aberi eky'e Besumaaka, ni batuuma ekifunvu ku kibuga nga kyolekera ekigo: abantu bonabona ababbaire n'o Yowaabu ni bakoonanga bugwe okumusuula. 16Awo omukali ow'a magezi n'a tumulira waigulu ng'a yema mu kibuga nti muwulire, muwulire; mbeegayiriire, mukobe Yowaabu nti Sembera wano ntumule naiwe.17N'amusemberera; Omukali n'a tumula nti iwe Yowaabu? N'a iramu nti ninze oyo. Kaisi n'a mukomba nti wulira ebigambo eby'o muzaana wo. N'airamu nti mpulira. 18Kaisi n'atumula nti eira batumulanga nti tibalireka kubuulirya magezi e Yaberi: ni bamalira awo ekigambo. 19Nze ndi wo ku abo abataka emirembe era abeesigwa mu Isiraeri: otaka okuzikirirya ekibuga n'o maye w'a baana mu Isiraeri: otakira ki okumira obusika bwa Mukama?20Yowaabu n'a iramu n'a tumula nti kiirire edi, kiirire edi nze okumira oba okuzikirirya. 21Ekigambo ti kiri kityo: naye omusaiza ow'e nsi ey'e nsozi eye Efulayimu, eriina lye Seba mutaane wa Bikuli, agololeire omukono gwe ku kabaka, ku Dawudi: mumuweeyo iye yenka, nzena n'a viire ku kibuga. Omukali n'a koba Yowaabu nti bona, omutwe niigwo gwakasukibwa eri iwe ku bugwe. 22Awo omukali n'a yaba eri abantu bonabona n'a magezi ge. Ni bamusalaku omutwe Seba mutaane wa Bikuli, ni bagukasuka eri Yowaabu. N'a fuuwa eikondeere, ni basaansaana okuva ku kibuga, buli muntu mu weema ye. Yowaabu n'airayo e Yerusaalemi eri kabaka.23Awo Yowaabu niiye yabbaire omukulu w'e igye lyonalyona erya Isiraeri: n'o Benaya mutaane wa Yekoyaada niiye yabbaire omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi;24n'o Adolaamu niiye yabbaire omusoloozya w'o musolo: n'o Yekosafaati mutaane wa Akirudi niiye yabbaire omwijukirya:25n'o Seva niiye yabbaire omuwandiiki: n'o Zadooki n'o Abiyasaali niibo Babbaire bakabona:26n'o Ira imuyayiri naye yabbaire mukulu wa Dawudi.
1Awo ni wabba enjala ku mirembe gya Dawudi emyaka isatu buli mwaka nga gwiririra gwinaye; Dawudi n'a sagira amaiso ga Mukama. Mukama n'a tumula nti lwa Sawulo na lwe nyumba ye ey'o musaayi, kubanga yaitire Abagibyoni.2Kabaka n'ayeta Abagibyoni n'a bakoba: (era Abagibyoni tebabbaire b'o ku baana ba Isiraeri naye b'o ku kitumdu ekyasigaire eky'Abamoli; n'a baana ba Isiraeri babbaire babalayiriire: Sawulo n'a taka okubaita ng'a kwatiibwe eiyali olw'a baana ba Isiraeri ne Yuda:) 3Dawudi n'akoba Abagibyoni nti nabakolera ki? era natangirira na ki, kaisi musabire omukisa obusika bwa Mukama?4Awo Abagibyoni ni bamukoba nti ti kigambo ky'e feeza oba zaabu eri ife n'o Sawulo oba nyumba ye; so ti kitusaanira kwita muntu yenayena mu Isiraeri. N'atumula nti kye mwatumulira na kibakolera.5Ne bakoba kabaka nti Omusaiza eyatuzikiriirye n'a tusaliire amagezi, tumalibwewo obutabba mu nsalo gyonagona egya Isiraeri, 6baweeyo eri ife abasaiza musanvu ku bataane be, tubawanike eri Mukama mu Gibeya ekya Sawulo omulonde wa Mukama. Kabaka n'a tumula nti ndibawaayo.7Naye kabaka n'a sonyiwa Mefibosesi mutaane wa Yonasaani mutaane wa Sawulo, olw'e kirayiro kya Mukama ekyabbaire wakati waabwe, wakati wa Dawudi n'o Yonasaani mutaane wa Sawulo. 8Naye kabaka n'a twala bataane ba Lizupa muwala wa Aya bombiri, be yazaaliire Sawulo, Alumoni n'o Mefibosesi: n'a bataane ba Mikali muwala wa Sawulo abataane, be yazaaliire Aduliyeri mutaane wa Baluzirayi Omumekolasi: 9n'abawaayo mu mikono gy'Abagibyoni, ne babawanikira ku lusozi mu maiso ga Mukama, ni bafiira wamu (bonabona) omusanvu: era baitibwe mu biseera eby'a makungula nga byakaiza bisooke, amakungula ga sayiri nga gatanwire okubbaawo.10Awo Lizupa muwala wa Aya n'airira ebibukutu n'abyeyalira ku lwazi, okuva ku makungula we gasookeire okutuusya amaizi lwe gabafukibweku agava mu igulu; n'ataganya nyonyi gy'o mu ibbanga kubagwaku emisana waire ensolo egy'o mu nsiko obwire. 11Ne bakobera Dawudi Lizupa muwala wa Aya, omuzaana wa Sawulo, bye yakolere.12Dawudi n'a yaba n'a toola amagumba ga Sawulo n'a magumba ga Yonasaani mutaane we ku basaiza ab'e Yabesugireyaadi, ababbaire bagaibbire mu luguudo olw'e Besusani Abafirisuuti gye bagawanikiire ku lunaku Abafirisuuti kwe baitiire Sawulo e Girubowa: 13n'atoolayo amagumba ga Sawulo n'a magumba ga Yonasaani mutaane we; ne bakuŋaanya amagumba g'abo abaawanikiibwe.
1Awo Dawudi n'a koba Mukama ebigambo eby'o lwembo luno ku lunaku Mukama kwe yamuwonyeirye mu mukono gw'a balabe be bonabona n'o mu mukono gwa Sawulo: 2n'a tumula nti Mukama nilwo lwazi lwange era ekigo kyange era omulokozi wange, owange nze;3Katonda ow'o lwazi lwange, oyo gwe nesiganga; Engabo yange, era eiziga ery'o bulokozi bwange, ekigo kyange ekiwanvu, era ekiirukiro kyange; Omulokozi wange, niiwe omponya mu kyeju. 4Nakungiire Mukama, asaaniire okutenderezebwa: Ntyo bwe nalokokanga eri abalabe bange.5Kubanga amayengo ag'o kufa gazingizya, amataba ag'o butatya Katonda ni gantiisya. 6Emiguwa egy'e magombe gyaneetooloire: Ebyambika eby'o kufa byantuukireku.7Bwe naboine enaku ni nkungira Mukama, niiwo awo, nakungiire Katonda wange: n'a wulira eidoboozi lyange ng'a yema mu yeekalu ye, okukunga kwange ni kutuuka mu matu ge.8Ensi kaisi n'e sagaasagana n'etengera, emisingi gy'e igulu ni gijulukuka ni gitengerezebwa, kubanga asunguwaire. 9Omwoka ne gunyooka okuva mu nyindo gye, n'o musyo ogwaviire mu munwa gwe ni gwokya: ni gukwata amanda.10Yakutamirye n'e igulu n'a serengeta; endikirirya enziyivu ne bba wansi w'e bigere bye. 11Ne yeebagala kerubi n'a buuka: niiwo awo, yabonekeire ku biwawa by'e mpewo. 12N'afuula endikirirya okubba eweema egimwetoolooire: Amaizi we gakuŋaanira, ebireri ebiziyivu eby'o mu igulu.13Okumasamasa okwabbaire mu maiso ge ni kwakisya amanda ag'o musyo. 14Mukama n'a bwatuka ng'a yema mu igulu, ali waigulu inu n'a leeta eidoboozi lye. 15N'alasa obusaale n'a basaansaanya; n'a weererya okumyansa n'a beeraliikirirya.16Awo ensalosalo egy'e nyanja kaisi ne giboneka, E emisingi gy'e nsi ni gyeruka, olw'okunenya kwa Mukama, Olw'o kufuuwa omwoka ogw'o mu nyindo gye.17Yatumire ng'a yema waigulu n'a ntwala; N'a mpalula n'a ntoola mu maizi amangi; 18N'a mponya eri omulabe wange ow'a maani, Eri abo abankyawa; kubanga banyingire Amaani.19Bangwireku ku lunaku kwe nabonekeire enaku: Naye Mukama niiye yanywezerye. 20Era n'a nfulumya n'a ndeeta mu kifo ekigazi: Yamponyerye kubanga ya nsanyukiire. 21Mukama yampire empeera ng'o butuukirivu bwange bwe bwabbaire: Ansaswire ng'o bulongoofu bw'e ngalo gyange bwe bwabbaire.22Kubanga na kuumanga amangira ga Mukama, So tingiranga ku Katonda wange lwe kyeju. 23Kubanga emisango gye gyonagyona gy'a bbanga mu maiso gange: N'a mateeka ge tigavangamu.24Era nabbanga eyatuukiriire eri iye, ni neekuuma mu butali butuukirivu bwange. 25Mukama kyaviire ansasula ng'o butuukirivu bwange bwe bwabbaire: Ng'o bulongoofu bwange bwe bwabbaire mu maiso ge.26Awali ow'e kisa yeraganga we kisa, awali omuntu eyatuukiriire yeraganga mutuukirivu; 27Awali omulongoofu yeraganga mulongoofu; Era awali omukakanyali yeraganga aziyizya.28Era olirokola abantu abaabonyabonyezebwa: Naye amaiso go galingirira ab'a malala obaikye wansi. 29Kubanga niiwe tabaaza yange, ai Mukama: Era Mukama alyakira endikirirya yange.30Kubanga ku lulwo ngiruka mbiro ni numba ekibiina: Ku lwa Katonda wange mbuuka ekigo: 31Katonda engira niiyo yatuukiriire: Ekigambo kya Mukama kyakemeibwe; oyo niiyo ngabo eri abo bonabona abamwesiga.32Kubanga niiye ani Katonda wabula Mukama? Oba yani lwazi wabula Katonda waisu? 33Katonda niikyo ekigo kyange eky'a maani: Era aluŋamya eyatuukiriire mu ngira ye.34Afuula ebigere bye okubba (ng'e bigere) by'e nangaazi: Era anteeka ku bifo byange ebigulumivu. 35Ayegeresya engalo gyange okulwana; Emikono gyange ne gitega omutego ogw'e kikomo.36Era ompaire engabo ey'o bulokozi bwo: N'o buwombeefu bwo bungulumizirye. 37Wagaziyirye ebisinde byange wansi wange, Ebigere byange ni bitatyerera.38Nayiganya abalabe bange, ne mbazikirirya; So nakyukire ate nga bakaali kumalibwawo. 39Era mbamalirewo ne mbasumitira dala n'o kusobola ni batasobola kugolokoka: Niiwo awo, bagwire wansi w'e bigere byange.40Kubanga onsibire amaani ag'o kulwana: Owangwire wansi wange abo abangolokokeraku. 41Era abalabe bange obankubbisirye amabega, nzikirirye abo abankyawa.42Balingire naye wabula wo kulokola; Balingiriire Mukama naye n'atabairamu. 43Awo ni mbasekulirasekulira dala ng'e nfuufu ey'o ku nsi, Nabasamba ng'e bitosi eby'o mu nguudo ne mbasaansaanya.44Era omponyerye mu kuwakana kw'a bantu bange; n'o nkuuma okubba omutwe gw'a mawanga: Eigwanga lye ntamanyanga lirimpeererya. 45Banaigwanga balinjeemulukukira: Nga baakaiza bampulire baliŋondera. 46Banaigwanga baliweerera, Era baliva mu bifo byabwe eby'e kyama nga batengera.47Mukama mulamu; era lwazi lwange atenderezebwe; Agulumizibwe Katonda ow'o lwazi olw'o bulokozi bwange: 48Niiye Katonda ampalanira eigwanga, N'aitisya amawanga wansi wange, 49Era antoola mu balabe bange: Niiwo awo, ongulumizirye okusinga abo abangolokokeraku: Omponyerye eri omusaiza ow'e kyeju.50Kyenaaviire nkwebalya, ai Mukama, mu mawanga, ni nyemba okutendereza eriina lyo. 51Awa kabaka we obulokozi obunene: Era amukola eby'e kisa ekingi oyo gwe yafukireku amafuta, Dawudi n'e izaire lye emirembe gyonagyona.
1Bino niibyo ebigambo bya Dawudi eby'e nkomerero. Dawudi mutaane wa Yese natumula, era omusaiza eyagulumiziibwe waigulu atumula, Katonda wa Yakobo gwe yafukireku amafuta, Era asanyusya olwa zabbuli gya Isiraeri: 2Omwoyo gwa Mukama gwatumuliire mu nze, Ekigambo kye ni kibba ku lulimi lwange.3Katonda wa Isiraeri yatumwire, Lwazi lwa Isiraeri yankobere: Omuntu afuga abantu n'o butuukirivu, Afuga ng'atya Katonda, 4Alibba ng'omusana gw'amakeeri, eisana bwerivaayo, obwire obw'a makeeri obubulaku bireri; Omwido omugonvu (bwe guva) mu itakali, Olw'o kwaka okutangaliija amaizi nga gakyeire.5Mazima enyumba yange teri etyo eri Katonda; Naye yalagaine nanze endagaanu eteriwaawo, Eyeeteekereteekere mu byonabona era ey'e nkalakalira; Kubanga niibwo bulokozi bwange bwonabwona era kye neegomba kyonakyona, waire nga takikulya.6Naye abatatya Katonda bonabona balibba ng'amawa ag'o kusindikibwa, Kubanga tegasobola kukwatibwa n'o mukono: 7Naye omuntu agakomaku kimugwanira okubba dala n'e kyoma n'o lunyago lw'e isimu; Era galyokyerwa dala omusyo mu kifo kyago.8Gano niigo maina ag'a basaiza ab'a maani Dawudi be yabbaire nabo: Yosebubasusebesi Omutakemoni, omukulu w'a baami; era bwe yabbaire atyo Adino Omwezeni, eyalwaine n'o lunaana abaitiirwe awamu.9Ereazaali n'a mwiririra mutaane wa Dodayi omwana w'Omwakoki omumu ku basaiza abasatu ab'a maani ababbaire n'o Dawudi, bwe baasoomozerye Abafirisuuti ababbaire bakuŋaaniire eyo okulwana, n'a basaiza ba Isiraeri nga baabire: 10n'a golokoka n'aita Abafirisuuti omukono gwe ni gukoowa, omukono gwe ni gwegaita n'e kitalali: Mukama n'a leeta okuwangula okunene ku lunaku olwo; abantu ni bairayo enyuma we okunyaga obunyagi.11N'o Sama mutaane wa Agee Omukalali niiye yamwiriirie. Awo Abafirisuuti babbaire bakuŋaine okubba ekibiina awabbaire omusiri ogw'e bijanjaalo; abantu ni bairuka Abafirisuuti. 12Naye iye n'ayemerera wakati mu musiri n'a gukuuma n'a ita Abafirisuuti: Mukama n'a leeta okuwangula okunene.13N'a basatu ku bakulu asatu ne baserengeta ni baiza eri Dawudi mu biseera eby'a makungula eri empuku Adulamu; n'e kibiina ky'Abafirisuuti babbaire basiisiire mu kiwonvu Lefayimu. 14Era Dawudi yabbaire mu mpuku mu biseera ebyo n'Abafirisuuti ab'o mu kigo babbaire mu Besirekemu.15Awo Dawudi ni yeegomba n'atumula nti singa wabbairewo eyanywisya amaizi agava mu nsulo ey'e Besirekemu oluli ku wankaaki! 16N'a basaiza abasatu ab'a maani ne bawaguza mu igye ly'Abafirisuuti ni basena amaizi mu nsulo ey'e Besirekemu, eyabbaire ku wankaaki, ne bagatwala ne bagaleetera Dawudi: naye n'ataikirirya kunywaku, naye n'a gafuka eri Mukama. 17N'atumula nti kiirire edi, Ai Mukama, nze okukola kino: nywe omusaayi gw'a basaiza abaabire n'o bulamu bwabwe? kyeyaviire agaana okunywaku. Ebyo Abasaiza abasatu ab'a maani bye baakolere.18N'o Abisaayi mugande wa Yowaabu mutaane wa Zeruyiya niiye yabbaire omukulu w'a basatu abo. N'a galula eisimu lye okulwana n'e bisatu n'a baita n'abba n'e riina mu abo abasatu: 19Teyabbaire w'e kitiibwa okusinga abasatu abo? kyeyaviire afuuka omukulu waabwe: era yena teyatuukire ku basatu abo ab'o luberyeberye.20N'o Benaya mutaane wa Yekoyaada omwana w'o musaiza omuzira ow'e Kabuzeeri, eyakolere eby'a maani, n'aita batabane ba Aliyeri w'e Mowaabu bombiri: era yaserengetere n'a ita empologoma wakati mu bwina mu biseera eby'omuzira: 21era yaitire Omumisiri, omusaiza omusa: era Omumisiri yabbaire akwaite eisimu mu mukono gwe; yena n'aserengeta gy'ali ng'alina omwigo, n'a sika eisimu n'a litoola mu mukono gw'Omumisiri n'a mwita n'e isimu lye iye.22Ebyo Benaya Mutaane wa Yekoyaada bye yakolere n'abba n'e riina mu basatu abo ab'a maani. 23Yasingire ekitiibwa abo asatu naye teyatuukire ku basatu abo ab'o luberyeberye. Dawudi n'a mufuula omukulu w'a bakuumi.24No Asakeri mugande wa Yowaabu yabbaire w'o ku asatu abo: Erukanani Mutaane wa Dodo Omubesirekemu; 25Sama Omukalodi; Erika Omukalodi; 26Kerezi Omupaluti, Ira Mutaane wa Ikesi Omutekowa; 27Abiyezeri Omwanasosi, Mebunayi Omukusai; 28Zalumoni Omwakowa, Makalayi Omunetofa;29Kerebu Mutaane wa Baana Omunetofa, Itayi Mutaane wa Libayi ow'e Gibeya eky'abaana ba Benyamini; 30Benaya Omupirasoni, Kidayi ow'oku bwiga obw'e Geyaasi; 31Abi-aluboni Omwalubasi, Azumavesi Omubalukumi; 32Eriyaba Omusaaluboni, bataane ba Yaseni, Yonasaani;33Sama Omukalali, Akiyamu Mutaane wa Salali Omwalali; 34Erifereti Mutaane wa Akasubayi omwana w'o mu Maakasi, Eriyamu Mutaane wa Akisoferi Omugiro; 35Kezulo Omukalumeeri, Paalayi Omwalubi; 36Igali Mutaane wa Nasani ow'e Zoba, Bani Omugaadi;37Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi, abaatwaliranga ebyokulwanisya Yowaabu Mutaane we Zeruyiya; 38Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli; 39Uliya Omukiiti: omuwendo gwa bonabona asatu mu musanvu
1Awo obusungu ni bumukwata ate Mukama eri Isiraeri, n'a baweerera Dawudi ng'a tumula nti Yaba obale Isiraeri n'e Yuda. 2Awo kabaka n'a koba Yowaabu omukulu w'eigye eyabbaire naye nti Yaba obitebite mu bika bya Isiraeri byonabyona, okuva e Daani okutuuka e Beeruseba, mubale abantu ntegeere omuwendo gw'a bantu.3Yowaabu n'a koba kabaka nti Mukama Katonda wo ayongere ku bantu, bwe bekankana obungi, emirundi kikumi, n'a maiso ga mukama wange kabaka gakibone: naye mukama wange kabaka lwaki okusanyukira ekigambo ekyo? 4Naye ekigambo kya kabaka ni kisinga Yowaabu n'a bakulu b'e igye. Yowaabu n'a bakulu b'e igye ne bava mu maiso ga kabaka okubona abantu ba Isiraeri.5Ni basomoka Yoludaani ni basiisira mu Aloweri, ku luuyi olulyo olw'e kibuga ekiri mu kiwonvu kya Gaadi n'o kutuuka e Yazeri: 6Kaisi ni batuuka e Gireyaadi n'o mu nsi ey'e Tatimukodusi; ni batuuka e Dani-yaani ne beetooloola okutuuka e Sidoni, 7ne batuuka ku kigo eky'e Tuulo, no mu bibuga byonabyona eby'Abakiivi n'eby'Abakanani: ni bamalira ku bukiika obulyo obwe Yuda e Beeruseba.8Awo bwe baamalire okubitabita mu nsi yonayona, ni baiza e Yerusaalemi emyezi mwenda n'e naku abiri nga gibitirewo. 9Yowaabu n'awa kabaka omuwendo gw'a bantu gwe babalire: era wabbairewo mu Isiraeri abasaiza abazira obusiriivu munaana abaasowolanga ebitala; n'a basaiza ba Yuda babbaire abasaiza obusiriivu butaano.10Awo omwoyo ni guluma Dawudi bwe yamalire okubala abantu. Dawudi n'a koba Mukama nti Nyonoonere inu olw'ekyo kye nkolere: naye atyanu, ai Mukama, nkwegayiriire, toolawo obutali butuukirivu bw'o mwidu wo; kubanga nkolere eby'o busirusiru bungi inu.11Awo Dawudi bwe yagolokokere amakeeri, ekigambo kya Mukama ni kiizira nabbi Gaadi, Omuboni wa Dawudi, ng'a tumula nti 12Yaba okobe Dawudi nti atyo bw'atumula Mukama nti nkuteekeirewo bino bisatu; weerondereku ekimu nkikukole.13Awo Gaadi n'aiza eri Dawudi n'a mukobera n'a mukoba nti emyaka egy'e njala musanvu girikwizira mu nsi yo? Oba oliruukira emyezi isatu mu maiso g'a balabe bo, ibo nga bakuyiganya? oba walibbaawo enaku isatu egya kawumpuli mu nsi yo? teesya olowooze bwe mba mwiramu oyo antumire. 14Awo Dawudi n'a koba Gaadi nti nsobeirwe inu: tugwe mu mukono gwa Mukama; kubanga okusaasira kwe kungi: ni ntagwa mu mukono gwa bantu.15Awo Mukama n'a leeta kawumpuli ku Isiraeri okuva amakeeri okutuuka mu biseera ebyateekeibwewo: awo ku bantu ni kufaaku abasaiza musanvu okuva e Daani okutuuka e Beeruseba. 16Awo malayika bwe yagoloire omukono gwe eri Yerusaalemi okwikirirya, Mukama ne yejusya ekibbiibi, n'a koba malayika eyazikiriirye abantu nti kyamala; Iryayo atyanu omukono gwo. Era malayika wa Mukama yabbaire ku iguuliro lya Alawuna Omuyebusi.17Awo Dawudi n'akoba Mukama bwe yaboine malayika eyalwairye abantu n'a tumula nti bona, nze nyonoonere, era nze nkolere eby'obubambaavu: naye entama gino, bakolere ki ibo? nkwegayiriire, omukono gwo gulwane nanze n'e nyumba ya itawange.18Awo Gaadi n'a iza eri Dawudi ku lunaku olwo n'a mukoba nti yambuka ozimbire Mukama ekyoto mu iguuliro lya Alawuna Omuyebusi. 19Awo Dawudi n'a yambuka nga Gaadi bwe yatumwire nga Mukama bwe yalagiire. 20Awo Alawuna n'a moga n'a bona kabaka n'a baidu be nga baiza nga bamusemberera: Alawuna n'a fuluma n'a vuunama amaiso ge mu maiso ga kabaka.21Awo Alawuna n'a tumula nti Mukama wange kabaka aiziriire ki eri omwidu we? Dawudi n'a tumula nti Okugulaana naiwe eiguuliro; okuzimbira Mukama ekyoto, kawumpuli aziyizibwe mu bantu. 22Alawuna n'a koba Dawudi nti Mukama wange kabaka atwale aweeyo by'eyasiima byonabyona: bona, ente egy'e kiweebwayo ekyokyebwa, n'e bintu ebiwuula n'a matandiiko g'e nte okubba enku: 23bino byonabyona, ai kabaka, Alawuna abiwa kabaka. Alawuna n'a koba kabaka nti Mukama Katonda wo akwikirirye.24Kabaka n'a koba Alawuna nti bbe; naye n'aligulaana naiwe n'e bintu; so tinaweyo ebiweebwayo ebyokyebwa eri Mukama Katonda wange ebitangitiire byange. Awo Dawudi n'a gula eiguuliro n'e nte ne sekeri egye feeza ataanu. 25Awo Dawudi n'a zimbira eyo ekyoto eri Mukama, n'a waayo ebiweebwayo ebyokyebwa n'e biweebwayo olw'e mirembe. Awo Mukama ne yeegayiririrwa ensi, kawumpuli n'aziyizibwa mu Isiraeri.
1Era Erisa yabbaire akobere omukali gwe yazuukiriirye omwana we ng'atumula nti golokoka oyabe iwe n'e nyumba yo obbe yonayona gy'olisobola okubba: kubanga Mukama ayetere enjala; kale n'o kugwa erigwira ku nsi emyaka musanvu. 2Awo omukali n'agolokoka n'akola ng'e kigambo bwe kyabbaire eky'o musaiza wa Katonda: n'ayaba n'e nyumba ye n'abba mu nsi y'Abafirisuuti emyaka musanvu.3Awo olwatuukire emyaka omusanvu bwe gyabitirewo; omukali n'airawo ng'ava mu nsi y'Abafirisuuti: n'afuluma okukukungirira kabaka olw'e nyumba ye n'ekyalo kye: 4Awo kabaka yabbaire ng'atumula n'o Gekazi omwidu w'o musaiza wa Katonda ng'akoba nti nkwegayiriire, nkobera ebikulu byonabyona Erisa bye yakolere.5Awo olwatuukire bwe yabbaire ng'akobera kabaka bwe yazuukiire oyo eyabbaire afiire, bona, omukali gwe yazuukiriirye omwana we n'akungirira kabaka olw'e nyumba ye n'e kyalo kye. Gekazi n'atumula nti Mukama wange, ai kabaka, ono niiye omukali n'ono niiye omwana we Erisa gwe yazuukiirye. 6Awo kabaka bwe yabwiirye omukali n'amukobera. Awo kabaka n'amuteekaku omumbowa mumu ng'atumula nti mwirirye byonabyona ebyabbaire ebibye n'e bindi byonabyona eby'e kyalo okuva ku lunaku lwe yaviiriiremu mu nsi okutuusya atyanu.7Awo Erisa n'aiza e Damasiko; era Benikadadi kabaka w'e Busuuli yabbaire ng'alwaire; ne bamukobera nti Omusaiza wa Katonda aizire eno. 8Kabaka n'akoba Kazayeeri nti twala ekirabo mu mukono gwo oyabe osisinkane omusaiza wa Katonda omubuuliryemu eri Mukama ng'otumula nti Ndiwona endwaire eno? 9Awo Kazayeeri n'ayaba okumusisinkana n'atwala ekirabo eky'oku buli kintu ekisa eky'o mu Damasiko, ebyetiikibwa n'e ŋamira ana, n'aiza n'ayemerera mu maiso ge n'atumula nti Omwana wo Benikadadi kabaka w'e Busuuli antumire gy'oli ng'atumula nti ndiwona endwaire eno?10Erisa n'amukoba nti Yaba omukobe nti tolireka kuwona; naye Mukama antegeezerye nga talireka kufa. 11N'amwekalisisya maiso okutuusya ensoni lwe gyamukwaite: omusaiza wa Katonda n'akunga amaliga. 12Awo Kazayeeri n'atumula nti Mukama wange akungira ki? N'airamu nti kubanga maite obubbiibi bw'olikola abaana ba Isiraeri: ebigo byabwe olibyokya omusyo, n'abaisuka baabwe olibaita n'e kitala, era olitandagira abaana baabwe abatobato, era olibbaaga abakali baabwe abali ebida.13Awo Kazayeeri n'atumula nti Naye omwidu wo niikyo ki, niiye mbwa obubbwa, akole ekigambo ekyo ekikulu? Erisa n'airamu nti Mukama antegeezerye nga iwe olibba kabaka w'e Busuuli. 14Awo n'ava awali Erisa n'aiza eri mukama we; n'amukoba nti Erisa yakukobere ki? N'airamu nti Yankobeire nga tolireka kuwona. 15Awo olwatuukire amakeeri n'airira eky'okwebiika n'akiinika mu maizi n'akiteeka ku maiso ge n'okufa n'afa: Kazayeeri n'afuga mu kifo kye.16Awo mu mwaka ogw'okutaanu ogwa Yolaamu mutaane wa Akabu kabaka wa Isiraeri, Yekosafaati nga niiye kabaka we Yuda mu birseera ebyo, Yekolaamu Mutaane wa Yekosafaati kabaka we Yuda n'atandika okufuga. 17Yabbaire yaakamala emyaka asatu na ibiri bwe yatandikire okufuga; n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.18N'atambulira mu ngira ya bakabaka ba Isiraeri ng'enyumba ya Akabu bwe bakolanga: kubanga yafumbiirwe muwala wa Akabu: n'akola ebyabbaire mu maiso ga Mukama ebibbiibi. 19Naye Mukama teyatakire kuzikirirya Yuda ku lwa Dawudi omwidu we nga bwe yamusuubizirye okumuwa etabaaza olw'a baana be emirembe gyonagyona.20Ku mirembe gye Edomu n'ajeema okuva wansi w'o mukono gwa Yuda, ni beekolera kabaka. 21Awo Yolaamu n'asomoka n'ayaba e Zayiri n'amagaali ge gonagona wamu naye: n'agolokoka obwire n'akubba Abaedomu abaamuzingizingizirye, n'abaami b'amagaali: abantu ni bairukira mu weema gyabwe.22Awo Edomu n'ajeema okuva wansi w'o mukono gwe Yuda ne watynu. Awo Libuna n'ajeema mu biseera ebyo. 23Era ebikolwa ebindi byonabyona ebya Yolaamu ne byonabyona bye yakolere tebyawandiikiibwe mu kitabo eky'e by'omu mirembe gya bakabaka ba Yuda? 24Awo Yolaamu ne yeekungira wamu na bazeiza be n'aziikirwa wamu na bazeizabe mu kibuga kya Dawudi: Akaziya Mutaane we n'afuga mu kifo kye.25Mu mwaka ogw'e ikumi n'eibiri ogwa Yolaamu mutaane wa Akabu kabaka we Isiraeri Akaziya mutaane wa Yekolaamu kabaka we Yuda n'atandika okufuga. 26Yabbaire yaakamala emyaka abiri na ibiri bwe yatandikire okufuga; n'afugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. N'o maye eriina lye yabbaire Asaliya muwala wa Omuli kabaka w'e Isiraeri. 27N'atambulira mu ngira y'e nyumba ya Akabu n'akola ebyabbaire mu maiso ga Mukama ebibbiibi ng'e nyumba ya Akabu bwe bakolanga: kubanga yabbaire muko w'e nyumba ya Akabu.28N'ayaba n'o Yolaamu mutaane wa Akabu okulwana n'i Kazayeeri kabaka w'e Busuuli e Lamosugireyaadi: Abasuuli ne basumita Yolaamu ekiwundu. 29Awo kabaka Yolaamu n'airawo okuwonera e Yezuleeri ebiwundu Abasuuli bye bamusumitire e Laama bwe yalwaine n'o Kazayeeri kabaka w'e Busuuli. Akaziya mutaane wa Yekolaamu kabaka we Yuda n'aserengeta okulambula Yolaamu mutaane wa Akabu e Yezuleeri kubanga alwaire.
1Era bano niibo baizire eri Dawudi e Zikulagi ng'a kaali yegisire olwa Sawulo, mutaane wa Kiisi: era baabbanga mu basaiza ab'a maani abaamubbeeranga okulwana. 2Bakwatanga emitego era basoboire okuvuumuula amabbaale n'o kulasa obusaale ku mutego n'omukono omulyo era n'o mugooda; babbaire bo ku bagande ba Sawulo, ba Benyamini.3Akiyezeri niiye yabbaire omukulu, Yowaasi n'a mwiririra, bataane ba Sema Omugibeya; n'o Yeziyeri n'o Pereti, bataane ba Azumavesi; n'o Beraka, n'o Yeeku Omwanasosi; 4n'o Isumaya Omugibyoni, Omusaiza ow'a maani mu abo asatu, era omukulu w'asatu; Yeremiya, n'o Yakaziyeri, n'o Yokanani, n'o Yozabadi Omugederi;5Eruzayi n'o Yerimosi, no Beyaliya n'o Semaliya, n'o Sefatiya Omukalufu; 6Erukaana n'o Issiya n'o Azaleri n'o Yowezeeri n'o Yasobeyamu, Abakoola; 7n'o Yowera n'o Zebadiya, bataane ba Yerokamu ow'e Gedoli.8N'o ku Bagaade ni kweyawula abasengereirye Dawudi ku kirukiro mu idungu abasaiza ab'a maani abazira, Abasaiza abayegereseibwe okulwana, abasoboire okukwata engabo n'eisimu; amaiso gaabwe nga gafaanana amaiso g'e mpologoma, era ab'e mbiro ng'e mpuuli egiri ku nsozi;9Ezeri omukulu, Obadiya ow'o kubiri, Eriyaabu ow'o kusatu; 10Misumanna ow'o kuna, Yeremiya ow'o kutaanu; 11Atayi ow'o mukaaga, Eriyeri ow'o musanvu; 12Yokanani ow'o munaana, Eruzabadi ow'o mwenda; 13Yeremiya ow'e ikumi, Makubannayi ow'e ikumi n'o mumu.14Abo ab'o ku baana ba Gaadi niibo babbaire abakulu b'e igye; omutomuto nga yekankana ekikumi, n'o mukulu nga yekankana olukumi. 15Abo niibo baasomokere Yoludaani mu mwezi ogw'o luberyeberye, nga gumalire okwanjaala ku itale lyagwo lyonalyona; ne babbinga abo bonabona ab'o mu biwonvu, ebuvaisana era n'e bugwaisana.16Awo ku baana ba Benyamini ne Yuda ne kwiza mu kirukiro eri Dawudi. 17Dawudi n'afuluma okubasisinkana, n'airamu n'abakoba nti Oba nga mwizire gye ndi mirembe okunyamba, omwoyo gwange gwegaita naimwe: naye oba nga mwizire okundyamu olukwe eri abalabe bange, nga mubula kabbiibi mu mikono gyange, Katonda wa bazeiza baisu akiringirire, akinenye:18Awo omwoyo kaisi ni gwiza ku Amasayi, eyabbaire omukulu w'abo asatu, n'atumula nti Tuli babo, Dawudi, era tuli ku lulwo, iwe mutaane wa Yese: emirembe, emirembe gibbe gy'oli, era emirembe gibe eri abo abakuyamba; kubanga Katonda wo akuyamba. Awo Dawudi n'abasangalira, n'abafuula abaami b'e kitongole.19Era n'o ku Manase n'o kusenguka abamu n'o basenga Dawudi, bwe yaizire awamu n'Abafirisuuti okutabaala Sawulo, naye ne batabayamba: kubanga abakungu b'Abafirisuuti bwe bamalire okuteesya ne bamubbinga, nga batumula nti eyasenga mukama we Sawulo n'aleeta akabbiibi ku mitwe gyaisu. 20Bwe yabbaire ng'ayaba e Zikulagi, ni kumusenga ku Manase Aduna n'o Yozabadi n'o Yediyayaeri n'o Mikayiri n'o Yozabadi n'o Eriku n'o Zirresayi, abaami b'enkumi aba Manase.21Ni bayamba Dawudi okulwana n'e kibiina eky'abakwekweti: kubanga bonabona babbaire basaiza ba maani abazira, era nga baami ab'o mu igye. 22Kubanga buli lunaku ni baiza eri Dawudi okumuyamba, okutuusya lwe baafuukire eigye einene, erifaanana eigye lya Katonda.23Era gino niigyo miwendo gy'emitwe gy'abo abaakwaite ebyokulwanisya okulwana, abaizire eri Dawudi e Kebbulooni, okukyusya obwakabaka bwa Sawulo eri iye, ng'e kigambo kya Mukama bwe kyabbaire. 24Abaana ba Yuda abaakwatanga engabo n'e isimu babbaire kakaaga mu lunaana abaakwaite ebyokulwanisya okulwana. 25Ku baana ba Simyoni abasaiza ab'a maani abazira okulwana, kasanvu mu kikumi.26N'o ku baana ba Leevi, enkumi ina mu lukaaga. 27Era Yekoyaada niiye yabbaire omukulemberi w'e nyumba ya Alooni, era ni wabba wamu naye enkumi isatu mu lusanvu; 28n'o Zadooki, omwisuka ow'a maani omuzira, n'o ku nyumba ya itaaye, abaami abiri n'a babiri.29N'o ku baana ba Benyamini, Bagande ba Sawulo, enkumi isatu: kubanga okutuusya ku biseera ebyo abasingire obungi babbaire banywereire ku nyumba ya Sawulo. 30N'o ku baana ba Efulayimu, emitwalo ibiri mu lunaana, abasaiza ab'a maani abazira, abasaiza abayatiikiriire mu nyumba gya bazeiza babwe. 31N'o ku kitundu ky'e kika kya Manase, mutwalo mu kanaana, abayatwirwe amaina gaabwe okwiza okufuula Dawudi kabaka.32N'o ku baana ba Isakaali, abasaiza abaategeera ebiseera bwe byabbaire, okumanya ebigwaniire Isiraeri okukola; emitwe gyabwe gyabbaire bibiri; ni babba baabwe bonabona bagonderanga okulagira kwabwe. 33Ku Zebbulooni abo abasobola okutabaala mu igye, abasoboire okusimba enyiriri, N'ebyokulwanisya eby'e ngeri gyonagyona, emitwalo itaanu; era abasoboire okusimba (enyiriri,) so abatabbaire be myoyo ibiri.34Ne ku Nafutaali, abaami lukumi, era wamu n'abo Ababbaire n'e ngabo n'e isimu, emitwalo isatu mu kasanvu. 35N'o ku Badani abasoboire okusimba enyiriri, emitwalo ibiri mu kanaana mu lukaaga.36N'o ku Aseri, abasoboire okutabaala mu igye, abasoboire okusimba enyiriri, emitwalo ina. 37N'emitala wa Yoludaani, ku Balewubeeni n'Abagaadi n'o ku kitundu ky'e kika kya Manase, nga balina eby'okulwanisya eby'e ngeri gyonagyona olw'o lutalo, kasiriivu mu emitwalo ibiri.38Abo bonabona, abasaiza abalwani, abasoboire okusimba enyiriri, ni baiza n'o mwoyo ogwatuukiriire e Kebbulooni, okufuula Dawudi kabaka wa Isiraeri yenayena: era n'Abaisiraeri abandi bonabona babbaire n'o mwoyo gumu okufuula Dawudi kabaka. 39Awo ne bamalayo wamu n'o Dawudi enaku isatu nga balya era nga banywa: kubanga bagande baabwe babbaire babategekeire. 40Era ate abo ababbaire okumpi, okutuuka ku Isakaali ne Zebbulooni ne Nafutaali, ni baleeta emigaati ku ndogoyi n'o ku ŋamira n'o ku nyumbu n'o ku nte, ebyokulya eby'o bwita; n'ebitole eby'e itiini n'e biyemba eby'e izabbibu enkalu n'o mwenge n'amafuta n'e nte n'e ntama nyingi: kubanga mu Isiraeri nga mulimu eisanyu.
1Awo olwatuukiire omwaka bwe gwatuukiriire mu kiseera bakabaka mwe batabaaliire, Yowaabu n'atabaalya amaani ag'e igye, n'azikya ensi y'a baana ba Amoni, n'aiza n'azingizya Labba. Naye Dawudi n'a sigala e Yerusaalemi. Yowaabu n'a menya Labba, n'akisuula.2Awo Dawudi n'atoola engule ya kabaka waabwe ku mutwe gwe, n'abona obuzito bwayo talanta ye zaabu, era nga mulimu amabbaale ag'omuwendo omungi; ni bagiteeka ku mutwe gwa Dawudi: n'atoolamu omunyago ogw'o mu kibuga mungi inu. 3N'atoolamu abantu ababbaire omwo; n'abasala n'e misumeeni n'a mainu ag'e byoma n'e mpasa. Era Atyo Dawudi bwe yakolere ebibuga byonabona eby'abaana ba Amoni. Dawudi n'abantu bonabona ni bairayo e Yerusaalemi.4Awo olwatuukire oluvanyuma lw'ebyo ni wabba entalo e Gezeri n'Abafirisuuti: awo Sibbekayi Omukusasi n'aita Sipayi ow'o ku baana b'e abaizukulu: ne bawangulwa. 5Ne wabba ate entalo n'Abafirisuuti; Erukanani mutaane wa Yayiri n'aita Lakami mugande wa Goliyaasi Omugiiti, olunyago lw'e isimu lye lwabbaire ng'omusaale ogulukirwaku engoye.6Ne wabba ate entalo e Gaasi, eyabbaire Omusaiza omuwanvu einu, engalo gye n'o bugere bwe abiri na buna, buli mukono mukaaga, na buli kigere mukaaga; era yena yazaaliirwe erintu eryo. 7Awo bwe yasoomozerye Isiraeri, Yonasaani mutaane wa Simeeya mugande wa Dawudi n'amwita. 8Abo bazaaliirwe erintu eryo e Gaasi; ni bagwa n'o mukono gwa Dawudi, n'o mukono gw'a baidu be.
1Awo mu mwaka ogw'oluberyeberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, ekigambo kya Mukama mu munwa gwa Yeremiya kituukirire, Mukama n'akubbirirya omwoyo gwa Kuulo kabaka w'e Buperusi n'okulangirira n'alangirira okubunisya obwakabaka bwe bwonabwona, n'okuwandiika n'abiwandiika ng'atumula nti 2Atyo bw'atumula Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonabwona obw'omu nsi Mukama Katonda w'eigulu abumpaire; era ankuutiire okumuzimbira enyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda.3Buli ali mu imwe ku bantu be bonabona, Katonda we abbe naye, ayambuke mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda, azimbe enyumba ya Mukama Katonda wa Isiraeri, (niiye Katonda,) ali mu Yerusaalemi. 4Era buli asigaire mu kifo kyonakyona mw'abba nga mugeni, abasaiza ab'omu kifo kye bamubbeere ne feeza ne zaabu n'ebintu n'ebisolo, obutateekaku ekyo kye bawaayo ku bwabwe eky'enyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi.5Awo emitwe gy'enyumba gya baitawabwe egya Yuda ne Benyamini ne bagolokoka, na bakabona n'Abaleevi, bonabona Katonda be yakubbirizirye omwoyo gwabwe okwambuka okuzimba enyumba ya Mukama edi mu Yerusaalemi. 6Awo abo bonabona ababeetooloire ne banywezya emikono gyabwe n'ebintu ebya feeza ne zaabu n'ebintu n'ebisolo n'ebintu eby'omuwendo omungi obutateekaaku ebyo byonabyona bye bawaireyo ku bwabwe.7Era Kuulo kabaka n'afulumya ebintu eby'omu nyumba ya Mukama Nebukaduneeza bye yatoire mu Yerusaalemi n'abiteeka mu isabo lya bakatonda be: 8ebyo Kuulo kabaka w'e Buperusi n'abifulumya mu mukono gwa Misuledasi omuwanika, n'abibalira Sesubazali omukulu wa Yuda.9Era guno niigwo muwendo gwabyo: esaani egya zaabu asatu, esaani egya feeza lukumi, obwambe abiri mu mwenda; 10ebibya ebya zaabu asatu, ebibya ebya feeza eby'omutindo ogw'okubiri bina na ikumi, n'ebintu ebindi lukumi. 11Ebintu byonabyona ebya zaabu n'ebya feeza byabbaire enkumi itaanu mu bina. Ebyo byonabyona Sesubazali yabitoireyo n'abireeta, abanyage bwe batoleibwe e Babulooni ne baleetebwa e Yerusaalemi.
1Era bano niibo baana ab'omu isaza, abaayambukire okuva mu busibe bw'abo abaatwaliibwe, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yatwaire e Babulooni, era abairireyo e Yerusaalemi no Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe; 2abasaiza no Zerubbaberi, Yesuwa, Nekemiya, Seraya, Leeraya, Moludekaayi, Birusani, Misupaali, Biguvayi, Lekumu, Baana. Omuwendo gw'abasaiza b'abantu ba Isiraeri:3abaana ba Palosi, enkumi ibiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri. 4Abaana ba Sefatiya, bisatu mu nsanvu mu babiri. 5Abaana ba Ala, lusanvu mu nsanvu mu bataano. 6Abaana ba Pakasumowaabu, ab'oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu, enkumi bbiri mu lunaana mu ikumi mu babiri.7Abaana ba Eramu, lukumi mu bibiri mu ataanu mu bana. 8Abaana ba Zatu, lwenda mu ana mu bataano. 9Abaana ba Zakayi, lusanvu mu nkaaga. 10Abaana ba Bani, lukaaga mu ana mu babiri.11Abaana ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu basatu. 12Abaana ba Azugaadi, lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri. 13Abaana ba Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu mukaaga. 14Abaana ba Biguvaayi, enkumi ibiri mu ataano mu mukaaga.15Abaana ba Adini, bina mu ataanu mu bana. 16Abaana ba Ateri, aba Keezeekiya, kyenda mu munaana. 17Abaana ba Bezayi, bisatu mu abiri mu basatu. 18Abaana ba Yola, kikumi mu ikumi mu babiri.19Abaana ba Kasumu, bibiri mu abiri mu basatu. 20Abaana ba Gibbali, kyenda mu bataano. 21Abaana ba Besirekemu, kikumi mu abiri mu basatu. 22Abasajja b'e Netofa, ataanu mu mukaaga.23Abasaiza b'e Anasosi, kikumi mu abiri mu munaana. 24Abaana ba Azumavesi, ana mu babiri. 25Abaana ba Kiriaswalimu, Kefira, ne Beerosi, lusanvu mu ana mu basatu. 26Abaana ba Laama ne Geba, lukaaga mu abiri mu mumu.27Abasaiza b'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri. 28Abasaiza b'e Beseri ne Ayi, bibiri mu abiri mu basatu. 29Abaana ba Nebo, ataanu mu babiri. 30Abaana ba Magubisi, kikumi mu ataanu mu mukaaga.31Abaana ba Eramu ogondi, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana. 32Abaana ba Kalimu, bisatu mu abiri. 33Abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu bataano.34Abaana b'e Yeriko, ebikumi bisatu mu ana mu bataanu. 35Abaana ba Senaa, enkumi satu mu lukaaga mu asatu.36Bakabona: abaana ba Yedaya, ab'omu nyumba ya Yesuwa, lwenda mu nsanvu mu basatu. 37Abaana ba Imeri, lukumi mu ataano mu babiri. 38Abaana ba Pasukuli, lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu. 39Abaana ba Kalimu, lukumi mu ikumi mu musanvu.40Abaleevi: abaana ba Yesuwa ne Kadumyeri, ab'oku baana ba Kodaviya, nsanvu mu bana. 41Abembi: abaana ba Asafu, kikumi mu abiri mu munaana. 42Abaana b'abaigali: abaana ba Salumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumoni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, bonabona kikumi mu asatu mu mwenda.43Abanesinimu: abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi: 44abaana ba Kerosi, abaana ba Siyaka, abaana ba Padoni: 45abaana ba Lebana, abaana ba Kagaba, abaana ba Akkabu; 46abaana ba Kagabu, abaana ba Samulaayi, abaana ba Kanani;47abaana ba Gidderi, abaana ba Gakali, abaana ba Leyaya; 48abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda, abaana ba Gazamu; 49abaana ba Uza, abaana ba Paseya, abaana ba Besayi; 50abaana ba Asuna, abaana ba Meyunimu, abaana ba Nefisimu;51abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli; 52abaana ba Bazulusi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa 53abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema; 54abaana ba Neziya, abaana ba Katifa.55Abaana b'abaidu ba Sulemaani: abaana ba Sotayi, abaana ba Kasoferesi, abaana ba Peruda; 56abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gideri; 57abaana ba Sefatiya, abaana ba Katiri, abaana ba Pokeresukazebayimu, abaana ba Ami. 58Abanesinimu bonabona n'abaana b'abaidu ba Sulemaani babbaire bisatu mu kyenda mu babiri.59Era bano niibo baayambukire okuva e Terumeera, e Terukalusa, e Kerubu, e Yaddani n'e Imeri: naye ne batasobola kulaga nyumba gya baitawabwe n'okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri: 60abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya, abaana ba Nekoda, lukaaga mu ataano mu babiri.61No ku baana ba bakabona: abaana ba Kabaya, abaana ba Kakozi, abaana ba Baluzirayi eyakweire Omukali ku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n'atuumibwa ng'eriina lyabwe bwe ryabbaire. 62Abo ne basaagira amaina gaabwe mu abo abaabaliibwe ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwabbaire, naye ne bataboneka: kyebaaviire bababoola ne bababbinga mu bwakabona. 63Tirusaasa n'abakoba balemenga okulya ku bintu ebitukuvu einu okutuusya lwe walibbaawo kabona alina Ulimu ne Sumimu.64Ekibiina kyonakyona okugaita kyabbaire emitwalo ina mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga, 65obutateekaku baidu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe kasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu: era babbaire abasaiza abembi n'abakali abembi bibiri.66Embalaasi gyabwe gyabbaire lusanvu mu asatu mu mukaaga; enyumba gyabwe bibiri mu ana mu itaanu; 67eŋamira zaabwe bina mu asatu mu itaano; endogoyi gyabwe kakaaga mu lusanvu mu abiri.68Awo abamu ku mitwe gy'enyumba gya itawabwe bwe baizire mu nyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi no bawaayo ku bwabwe olw'enyumba ya Katonda okugisimba mu kifo kyayo: 69ne bawa ng'obuyinza bwabwe bwe bwabbaire mu igwanika ery'omulimu daliki emitwalo mukaaga mu lukumi egya zaabu, ne laateri egya feeza enkumi itaanu, n'ebivaalo bya bakabona kikumi.70Awo bakabona n'Abaleevi n'abamu ku bantu n'abembi n'abaigali n'Abanesinimu ne babbanga mu bibuga byabwe ne Isiraeri yenayena mu bibuga byabwe.
1Awo omwezi ogw'omusanvu bwe gwatuukire, abaana ba Isiraeri nga bali mu bibuga, abantu ne bakugnaanira e Yerusaalemi ng'omuntu omumu. 2Awo Yesuwa mutaane wa Yozadaki n'ayemerera, na bagande be bakabona, ne Zerubbaberi mutaane wa Seyalutyeri, na bagande be, ne bazimba ekyoto kya Katonda wa Isiraeri okuweerangayo okwo ebiweebwayo ebyokyebwa, nga bwe kyawandiikiibwe mu mateeka ga Musa omusaiza wa Katonda.3Ne basimba ekyoto ku ntebe yaakyo; kubanga entiisya yababbaireku olw'abantu ab'omu nsi: ne baweerayo okwo ebiweebwayo ebyokyebwa eri Mukama, ebiweebwayo ebyokyebwa amakeeri n'akawungeezi. 4Ne bakwatanga embaga ey'ekigangu nga bwe kyawandiikiibwe ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ng'omuwendo gwabyo bwe gwabbaire, ng'ekiragiro bwe kyabbaire, ng'ebyagwaniire buli lunaku bwe byabbaire; 5n'oluvanyuma ekiweebwayo ekyokyebwa eky'emirembe gyonagyona, n'ebiweebwayo eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga gyonagyona eza Mukama egyalagiirwe, n'ebya buli muntu eyawaireyo ng'atakire ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama.6Ku lunaku olw'oluberyeberye olw'omwezi ogw'omusanvu kwe baasookeire okuwaayo ebiweebwayo ebyokyebwa eri Mukama: naye emisingi gya yeekaalu ya Mukama nga gikaali kutekebwawo. 7Era ne bawa abazimbi n'ababaizi efeeza; n'ebyokulya n'ebyokunywa n'amafuta ne babiwa w'e Sidoni n’ab'e Tuulo, okutooka emivule ku Lebanooni okugireta ku nyanza e Yopa nga Kuulo kabaka w'e Buperusi bwe yabalagiire.8Awo mu mwaka ogw'okubiri kasookeire baiza eri enyumba ya Katonda e Yerusaalemi, mu mwezi ogw'okubiri, Zerubbaberi mutaane wa Seyalutyeri mwe yasookeire ne Yesuwa mutaane wa Yozadaki no bagande baabwe abandi bakabona n'Abaleevi n'abo ababbaire baviire mu busibe obwo ne baiza e Yerusaalemi; ne balagira Abaleevi abaakamala emyaka asatu n'okusingawo okubonekera omulimu ogw'omu nyumba ya Mukama. 9Awo Yesuwa n'ayemerera na bataabane be na bagande be, Kadumyeri na bataabane be, bataabane ba Yuda, wamu okubonekera abakozi mu nyumba ya Katonda: bataane ba Kenadadi na bataane baabwe na bawala baabwe Abaleevi.10Awo abazimbi bwe bateekerewo emisingi gya yeekaalu ya Mukama, ne bateeka bakabona nga bambavaire ebivaalo byabwe nga balina amakondeere, n'Abaleevi bataane ba Asafu nga balina ebitaasa, okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isiraeri bwe yateekereteekere. 11Ne bemberagana nga batendereza nga beebalya Mukama nga batumula nti Kubanga musa, n'okusaasira kwe kubbaawo emirembe gyonagyona eri Isiraeri. Abantu bonabona ne batumulira waigulu n'eidoboozi inene bwe baatenderezere Mukama, kubanga emisingi gy'enyumba ya Mukama gitekeibwewo.12Naye bangi ku bakabona n'Abaleevi n'emitwe gy'ennyumba gya baitawabwe, abakaire aboine enyumba eyasookere, emisingi gy'enyumba eno bwe gyateekeibweyo mu maiso gaabwe, ne bakunga amaliga n'eidoboozi inene; bangi ne batumulira waigulu n'eisanyu: 13abantu n'okusobola ne batasobola kwawula eidoboozi lyo kutumulira waigulu n'eisanyu n'eidoboozi ery'okukunga kw'abantu: kubanga abantu batumuliire waigulu n'eidoboozi inene, oluyoogaano ne luwulirirwa wala.
1Awo abalabe ba Yuda ne Benyamini bwe bawuliire ng'abaana b'obusibe bazimbira yeekaalu Mukama Katonda wa Isiraeri; 2kaisi ne basemberera Zerubbaberi, n'emitwe gy'enyumba gya baitawabwe ne babakoba nti Ka tuzimbire wamu naimwe: kubanga tusagira Katonda wanyu era nga mweena; era tuwaayo saddaaka eri iye okuva ku mirembe gya Esaludadoni kabaka w'e Bwasuli eyatuniinisirye wano.3Naye Zerubbaberi no Yesuwa n'emitwe gy'enyumba gya baitawabwe egya Isiraeri abandi ne babakoba nti Mubula kigambo naife okuzimba enyumba eri Katonda waisu; naye ife fenka wamu tulizimba eri Mukama Katonda wa Isiraeri nga kabaka Kuulo Kabaka w'e Buperusi bwe yatulagiire.4Awo abantu ab'omu nsi ne banafuya emikono gy'abantu ba Yuda ne babatawanya mu kuzimba, 5ne bagulirira ab'okusala amagezi okubaziyizya okwita okuteesya kwabwe emirembe gyonagyona egya Kuulo kabaka w'e Buperusi okutuusya Daliyo kabaka w'e Buperusi lwe yaliire obwakabaka. 6No ku mirembe gya Akaswero nga yakaiza alye obwakabaka ne bawandiika okuloopa ababbaire mu Yuda no Yerusaalemi.7Ku mirembe gya Alutagizerugizi Bisulamu n'awandiika ne Misuledasi ne Tabeeri na bainaye abandi eri Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi: era ebbaluwa yawandiikirwe mu nyukuta egy'e Kisuuli, no mu lulimi Olusuuli. 8Lekumu ow’essaza no Simusaayi omuwandiiki ne bawandiika ebbaluwa eri Alutagizerugizi kabaka okuloopa Yerusaalemi bati:9awo Lekumu oweisaza no Simusaayi omuwandiiki na bainaabwe abandi ne bawandiika; Abadinayi n'Abafalasasuki n'Abataluperi n'Abafalusi n'Abalukevi n'Abababulooni n'Abasusanuki n'Abadekayi n'Abaweramu, 10n’amawanga gonagona agandi Osunapali omukulu ow'ekitiibwa ge yasomokerye n'ateeka mu kibuga ky'e Samaliya no mu nsi egendi eri emitala w'omwiga, n'ebindi bityo.11Ebbaluwa eno etooleibwe mu bbaluwa gye baaweereirye Alutagizerugizi kabaka; Abaidu bo abasaiza abali emitala w'omwiga n'ebindi bityo. 12Kabaka ategeere nga Abayudaaya abaaviire gy'oli ne bambuka batuukye gye tuli e Yerusaalemi; bazimba ekibuga ekyo ekijeemu ekibbiibi, era bamalire bugwe, era bamalire okudaabiriza emisingi.13Kabaka ategeere ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa no bbugwe bw'aliwa okukola, nga tebaliwa musolo, ebisalibwa, waire empooza, kale enkomerero bakabaka balifiirwa.14Kale kubanga tulya omunyu ogw'omu lubiri, so tetugwana kubona kabaka ng'anyoomebwa, Kyetwaviire tutuma ne tutegeeza kabaka; 15basaagire mu kitabo eky'okwijukirya ekya bazeizabo: otyo bw'olisanga mu kitabo eky'okujukirya, n'otegeera ng'ekibuga ekyo kibuga kijeemu, era nga kyonoona bakabaka n'amasaza era nga baajeemyanga abantu mu ekyo mu biseera eby'eira: ekibuga ekyo Kyeyaviire kizikirizibwa. 16Tutegeeza kabaka, ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa no bugwe bw'aliwa okukola, nga olw'ekyo tolibba ne kitundu emitala w'omwiga.17Awo kabaka n'atumira Lekumu oweisaza no Simusaayi omuwandiiki na bainaabwe abandi ababbaire mu Samaliya no mu nsi egendi edi emitala w'omwiga n'airamu nti Emirembe n'ebindi bityo. 18Ebbaluwa gye mwatuweerezerye esomeibwe mu maiso gange ne ngitegeera. 19Ne nteeka eiteeka, ne basaagira, era baboine ng'ekibuga ekyo okuva mu biseera eby'eira kyasaliranga bakabaka enkwe, n'obujeemu n'ekyeju byakolerwanga omwo.20Era waabbangawo bakabaka ab'amaani abaakulira Yerusaalemi abaafuganga ensi yonayona eri emitala w'omwiga: era baaweebwanga omusolo, ebisalibwa, n'empooza. 21Muteeke eiteeka abasaiza bano balekere awo, ekibuga ekyo kireke okuzimbibwa okutuusya lwe nditeeka eiteeka erindi. 22Era mwekuume muleke okutenguwa mu kino: akabbiibi kandikuliire ki bakabaka ne bafiirwa?23Awo ebbaluwa etoleibwe mu bbaluwa ya kabaka Alutagizerugizi bwe yasomeirwe mu maiso ga Lekumu no Simusaayi omuwandiiki ne bainaabwe, ne kaisi ne banguwa ne baaba e Yerusaalemi eri Abayudaaya, ne babalekesyayo n'amaani n'amawagali. 24Awo omulimu ogw'omu nyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi ne gulekebwayo; gwalekeibweyo okutuusya omwaka ogw'okubiri ogw'okufuga kwa Daliyo kabaka We Buperusi.
1Awo banabbi, Kagayi nabbi ne Zekaliya mutaane wa Ido, ne balagulira Abayudaaya ababbaire mu Yuda ne Yerusaalemi; mu liina lya Katonda wa Isiraeri mwe baabalaguliriire. 2Awo Zerubbaberi mutaane wa Seyalutyeri n'agolokoka no Yesuwa mutaane wa Yozadaki, ne batandiika okuzimba enyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi: era wamu nabo wabbairewo banabbi Katonda nga babayamba.3Mu biseera ebyo ne baiza gye bali Tatenayi owessaza ly'emitala w'omwiga no Sesalubozenayi no bannaabwe ne babakoba batyo nti Yani eyabawaire eiteeka okuzimba enyumba eno n'okumala bugwe ono? 4Awo ne tubakoba tutyo nti Abasaiza abakola enyumba eno amaina gaabwe niibo b'ani? 5Naye amaiso ga Katonda waabwe gabbaire ku bakaire b'Abayudaaya, ne batabalekesyayo okutuusya ekigambo lwe kirituuka eri Daliyo eby'okwiramu ne biiribwa mu bbaluwa olw'ekigambo ekyo.6Ebbaluwa etoleibwe mu bbaluwa Tatenayi owessaza ly'emitala w'omwiga no Sesalubozenayi na bainaye, Abafalusaki, ababbaire emitala w'omwiga, gye baaweerezerye Daliyo kabaka: 7ne bamuweerezya ebbaluwa eyawandiikiibwe eti nti Eri Daliyo kabaka mirembe myereere.8Kabaka ategeere nga twaizire mu isaza lya Yuda mu nyumba ya Katonda omukulu ezimbibwa n'amabbaale amanene, era emisaale giteekebwa mu bisenge, n'omulimu guno gwabe nga gweyongera n'okunyiikira mu mikono gyabwe. 9Awo ne tubuulya abakaire abo ne tubakoba tutyo nti Yani eyabawaire eiteeka okuzimba enyumba eno n'okumala bugwe ono? 10Era ne tubabuulya n'amaina gaabwe; okukutegeeza, tuwandiike amaina g'abasaiza ababakulira.11Kale ne bairamu batyo nti Tuli baidu ba Katonda w'eigulu n'ensi, era tuzimba enyumba eyazimbiibwe eira emyaka gidi emingi kabaka wa Isiraeri omukulu gye Yazimba n'amala.12Naye oluvannyuma baiza baisu bwe babbaire basunguwazirye Katonda w'eigulu, n'abagabula mu mukono gwa Nebukaduneeza kabaka w'e Babulooni Omukaludaaya, eyazikirizirye enyumba eno n'atwala abantu e Babulooni. 13Naye mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Babulooni, Kuulo kabaka n'ateeka eiteeka okuzimba enyumba eno eya Katonda.14Era n'ebintu eby'omu nyumba ya Katonda ebya zaabu n'ebya feeza, Nebukadduneeza bye yatoire mu yeekaalu eyabbaire mu Yerusaalemi n'abireeta mu yeekaalu ey'e Babulooni, ebyo Kuulo kabaka n’abitoola mu yeekaalu ey'e Babulooni, ne babiwa omuntu eriina lye Sesubazali gwe yabbaire afiire oweisaza; 15n'amukoba nti Twala ebintu bino, oyabe obiteeke mu yeekaalu eri mu Yerusaalemi, enyumba ya Katonda ezimbibwe mu kifo kyayo.16Awo Sesubazali oyo n'aiza n'ateekawo emisingi gy'enyumba ya Katonda edi mu Yerusaalemi: kale okuva ku biseera ebyo na buli atyanu nga bagizimba, era naye Ekaali a kugwa.17Kale oba nga kabaka asiima basagire mu igwanika lya kabaka eriri eyo e Babulooni, oba nga bwe biri bityo, ng'eiteeka lyateekeibwe erya Kuulo kabaka okuzimba enyumba eno eya Katonda e Yerusaalemi, kabaka atutumire atutegeeze bw'eyasiimire mu kigambo kino.
1Awo Daliyo kabaka kaisi n'ateeka eiteeka, ne basagira nu nyumba egisirwamu ebitabo by'obugaiga gye byagisiirwe mu Babulooni. 2Ne babonera e Yakunesa mu lubiri oluli mu isaza ery'Obumeedi omuzingo, ogwa wandiikiibwemu gutyo okubba ekijukizo nti3Mu mwaka ogw'oluberyeberye ogwa Kuulo kabaka, Kuulo kabaka n'ateeka eiteekali olw'enyumba ya Katonda eri e Yerusaalemi, enyumba ezimbibwe, ekifo mwe baweerayo sadaaka, n'emisingi gyayo giteekewewo ginywezebwe; obugulumivu bwayo emikono nkaaga, n'obugazi bwayo emikono nkaaga; 4n'embu isatu egy'amabbaale amanene n'olubu olw'emisaale emiyaka: era ebintu bye balifiirwa bitoolebwe mu nyumba ya kabaka: 5era ate ebintu eby'omu nyumba ya Katonda ebya zaabu n'ebya feeza Nebukaduneeza bye yatoire mu yeekaalu eri e Yerusaalemi, n'abireeta e Babulooni, biiribweyo bireetebwe ate mu yeekaalu eri e Yerusaalemi, kimu ku kimu mu kifo kyakyo, era olibiteeka mu nyumba ya Katonda.6Kale, Tatenayi oweisaza ery'emitala w'omwiga, Sesalubozenayi, na bainaanyu Abafalusaki abali emitala w'omwiga, mwesambe wala: 7muleke omulimu ogw'omu nyumba eno eya Katonda; oweisaza ow'omu Bayudaaya n'abakaire b'Abayudaaya bazimbe enyumba eno eya Katonda mu kifo kyayo.8Era ate nteeka eiteeka kye mubba mukole abakaire bano ab'Abayudaaya olw'okuzimba enyumba ya Katonda eno: batoole ku bintu bya kabaka ku musolo ogw'emitala w'omwiga bawe abasaiza bano bye balifiirwa n'okunyiikira kwonakwona, baleke okwegerebwa. 9N'ebyo bye byebeetaaganga, ente entonto era n'entama enume n'abaana b'entama okubba ebiweebwayo ebyokyebwa eri Katonda w'eigulu, eŋaano, omunyu, omwenge, n'amafuta, ng'ekigambo bwe kyabbanga ekya bakabona abali e Yerusaalemi, baweebwenga buli lunaku obutayosya: 10bawengayo saddaaka ez'eivumbe eisa eri Katonda w'eigulu, era basabire obulamu bwa kabaka n'obwa bataane be.11Era nteekere eiteeka buli eyawaanyisyanga ekigambo kino, omusaale gutoolebwenga mu nyumba ye, era asitulibwenga ateekebwenga okwo; n'enyumba ye efuulibwenga olubungo olw'ekyo: 12era Katonda eyabateekereyo eriina lye asuule bakabaka bonabona n'amawanga abagololanga emikono gyabwe okuwaanyisya ekyo, okuzikirizya enyumba eno eya Katonda eri e Yerusaalemi. Nze Daliyo nteekere eiteeka; likolebwe n'okunyiikira kwonakwona.13Awo Tatenayi oweisaza ery'emitala w'omwiga, Sesalubozenayi, na bainaabwe, kubanga Daliyo antumire, ne bakola batyo n'okunyiikira kwonakwona. 14Awo abakaire b'Abayudaaya ne bazimba ne babona omukisa olw'okulagula kwa Kagayi nabbi no Zekaliya mutaane wa Ido. Ne bazimba ne bagimala ng'ekiragiro bwe kyabbaire ekya Katonda wa Isiraeri, era n'ekiragiro kya Kuulo no Daliyo no Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi. 15Awo enyumba eno n'emalirwa ku lunaku olw'okusatu olw'omwezi Adali, ogw'omu mwaka ogw'omukaaga ogw'okufuga kwa Daliyo kabaka.16Awo abaana ba Isiraeri, bakabona n'Abaleevi, n'abaana b'obusibe abandi, ne bakwata n'eisanyu embaga ey'okutukuzya enyumba eno eya Katonda. 17Ne baweerayo mu kutukuzya enyumba eno eya Katonda ente kikumi, entama enume bibiri, abaana b'entama bina; n'okubba ekiweebwayo olw'ekibbiibi ekya Isiraeri yenayena, embuli enume ikumi na ibiri ng'omuwendo bwe gwabbaire ogw'ebika bya Isiraeri. 18Ne bateeka bakabona nga bwe baagerekerwe; n'Abaleevi mu biwu byabwe, olw'okuweereza Katonda ali e Yerusaalemi; nga bwe kyawandiikiibwe mu kitabo kya Musa.19Awo abaana b'obusibe ne bakwatira Okubitako ku lunaku olw'eikumi n'eina olw'omwezi ogw'oluberyeberye. 20Kubanga bakabona n'Abaleevi babbaire beerongooserya wamu; bonabona badi balongoofu: ne baitira Okubitaku abaana bonabona ab'obusibe na bagande baabwe bakabona boona beene.21Awo abaana ba Isiraeri ababbaire bairirewo okuva mu busibe n'abo bonabona ababbaire beeyawire gye bali okuva mu bugwagwa bwa banaigwanga ab'omu nsi okusaagira Mukama Katonda wa Isiraeri, 22ne balya ne bakwatira embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa n'eisanyu enaku ikumi na musanvu: kubanga Mukama yabbaire abasanyukiry, era yabbaire akyusirye omutima gwa kabaka w'e Bwasuli gye bali, okunywezya emikono gyabwe mu mulimu ogw'omu nyumba ya Katonda, Katonda wa Isiraeri.
1Awo oluvannyuma lw'ebyo ku mirembe gya Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi Ezera mutaane wa Seraya mutaane wa Azaliya mutaane wa Kirukiya 2mutaane wa Salumu mutaane wa Zadoki mutaane wa Akitubu 3mutaane wa Amaliya mutaane wa Azaliya mutaane wa Merayoosi 4mutaane wa Zerakiya mutaane wa Uzi mutaane wa Buki 5mutaane wa Abisuwa mutaane wa Finekaasi mutaane wa Ereyazaali mutaane wa Alooni kabona asinga obukulu:6Ezera oyo n'ayambuka ng'ava e Babulooni; era yabbaire muwandiiki mwangu mu mateeka ga Musa, Mukama Katonda wa Isiraeri ge yawaire; kabaka n'amuwa byonabyona bye yasabire, olw'omukono gwa Mukama Katonda we ogwabbaire ku iye. 7Awo abamu ku baana ba Isiraeri ne bambuka no ku bakabona n'Abaleevi n'abembi n'abaigali ne Banesinimu ne baiza e Yerusaalemi mu mwaka ogw'omusanvu ogwa Alutagizerugizi kabaka.8N'aiza e Yerusaalemi mu mwezi ogw'okutaanu ogw'omu mwaka ogw'omusanvu ogwa kabaka. 9Kubanga ku lunaku olw'oluberyeberye olw'omwezi ogw'oluberyeberye niikwo kwe yasookeire okwambuka okuva e Babulooni, no ku lunaku olw'oluberyeberye olw'omwezi ogw'okutaanu niikwo kwe yatuukiirie e Yerusaalemi, olw'omukono omusa ogwa Katonda we ogwabbaire ku iye. 10Kubanga Ezera yabbaire akakasirye omwoyo gwe okusagira amateeka ga Mukama n'okugakolanga n'okwegeresyanga mu Isiraeri amateeka n'emisango.11Era ebbaluwa eno yatoleibwe mu bbaluwa kabaka Alutagizerugizi gye yawaire Ezera kabona, omuwandiiki, omuwandiiki w'ebigambo eby'ebiragiro bya Mukama era ow'amateeka eri Isiraeri. 12Alutagizerugizi kabaka wa bakabaka awandiikiire Ezera kabona, omuwandiiki w'amateeka ga Katonda w'eigulu eyatuukiriire n'ebindi bityo. 13Nteeka eiteeka bonabona ab'oku bantu ba Isiraeri na bakabona baabwe n'Abaleevi mu bwakabaka bwange abataka ku bwabwe dala okwaba e Yerusaalemi, baabe naiwe.14Kubanga otumiibwe kabaka n'abateesya naye omusanvu okubuulya ebigambo bya Yuda ne Yerusaalemi, ng'amateeka bwe gali aga Katonda wo agali mu mukono gwo; 15n'okutwala feeza ne zaabu kabaka n'abateesya naye gye bawaireyo ku bwabwe eri Katonda wa Isiraeri, ekifo kye ky'abbairemu kiri mu Yerusaalemi, 16ne feeza yonayona ne zaabu gy'olisanga mu isaza lyonalyona ery'e Babulooni, wamu n'ekiweebwayo ku bwabwe eky'abantu n'ekya bakabona, nga bawaayo ku bwabwe olw'enyumba ya Katonda waabwe eri mu Yerusaalemi;17kyoliva onyiikira inu okugula ebintu bino ente, entama enume, abaana b'entama, n'ebiweebwayo byaku eby'obwita, n'ebiweebwayo byaku ebyokunywa, era olibiweerayo ku kyoto eky'omu nyumba ya Katonda wanyu eri mu Yerusaalemi. 18Era kyonakyona kye mulisiima okukola efeeza erifiikawo ne zaabu iwe ns bagande bo, ekyo mukikolanga nga Katonda wanyu bw'ataka.19N'ebintu by'oweebwa olw'okuweerezya okw'omu nyumba ya Katonda wo obiwangayo mu maiso ga Katonda w'e Yerusaalemi. 20Era byonabyona enyumba ya Katonda wo by'etaaga okusukiriryawo ebirikugwanira okuwaayo, obiwangayo ng'obitoola mu nyumba y'eigwanika lya kabaka.21Nzeena, nze Alutagizerugizi kabaka, nteeka eiteeka eri abawanika bonabona abali emitala w'omwiga, Ezera kabona omuwandiiki w'amateeka ga Katonda w'eigulu buli ky'alibasalira, kikolebwenga n'okunyiikira kwonakwona, 22okutuusya talanta eza feeza kikumi, n'ebigero by'eŋaano kikumi, n'ebideku by'omwenge kikumi, n'ebideku by'amafuta kikumi, n'omunyu obutagutumula bwe gubba gwekankana. 23Buli ekyalagirwanga Katonda w'eigulu kikolerwenga dala olw'enyumba ya Katonda w'eigulu; kubanga obusungu bwandibeereirewo ki eri obwakabaka bwa kabaka na bataane be?24Era tubanyonyola ebya bakabona n'Abaleevi, abembi, abaigali, Abanesinimu, oba abaidu b'enyumba eno eya Katonda, bonabona bwe bekankana, tekisobokenga kubasalira musolo waire ebisalirwa waire empooza.25Weena, Ezera, ng'amagezi ga Katonda wo bwe gali agali mu mukono gwo, londa abaami n'abalamuzi balamulenga abantu bonabona abali emitala w'omwiga, bonabona abamaite amateeka ga Katonda wo; n'oyo atagamaite mumwegeresyenga. 26Era buli ataikiriryenga kukwata mateeka ga Katonda wo n'amateeka ga kabaka, omusango bagukomekereryenga ku iye n'okunyiikira kwonakwona, oba gwo kwitibwa, oba gwa kukubbingibwa, oba gwo kunyagibwaku ebibye, oba gwo kusibibwa.27Mukama yeebazibwe Katonda wa bazeiza baisu, eyateekerewo ekigambo ekyenkaniire awo mu mwoyo gwa kabaka, okuyonja enyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi; 28era eyanyongeireku okusaasirwa mu maiso ga kabaka, n'abateesya naye ne mu maiso g'abakulu bonabona aba kabaka ab'amaite. Ne mpeebwa amaani olw'omukono gwa Mukama Katonda wange ogwabbaire ku nze, ne nkuŋaanya mu Isiraeri abakulu okwambuka nanze.
1Era bano niigyo emitwe gy'enyumba gya baitawabwe, era kuno niikwo kuzaalibwa kw'abo abaayambukire nanze okuva e Babulooni ku mirembe gya Alutagizerugizi kabaka. 2Ku bataabane ba Finekaasi, Gerusomu: ku bataabane ba Isamali, Danyeri: ku bataabane ba Dawudi, Katusi. 3Ku bataabane ba Sekaniya; ku bataabane ba Palosi, Zekaliya; era wamu naye ne wabalibwa ng'okuzaalibwa kw'abasaiza bwe kwabbaire, kikumi mu ataano.4Ku bataabane ba Pakasumowaabu, Erwenayi mutaane wa Zerakiya; era wamu naye abasaiza ebikumi bibiri. 5Ku bataane ba Sekaniya, mutaane wa Yakazyeri; era wamu naye abasaiza ebikumi bisatu. 6No ku bataabane ba Adini, Ebedi mutaane wa Yonasaani; era wamu naye abasaiza ataanu. 7Ne ku bataabane ba Eramu, Yesaya mutaane wa Asaliya, era awamu naye abasaiza nsanvu.8No ku batane ba Sefatiya, Zebadiya mutaane wa Mikayiri; era wamu naye abasajja kinaana. 9Ku bataane ba Yowaabu, Obadiya mutaane wa Yekyeri; era wamu naye abasaiza bibiri mu ikumi na munaana. 10No ku bataane ba Seromisi, mutaane wa Yosifiya; era wamu naye abasaiza kikumi mu nkaaga. 11No ku bataane ba Bebayi, Zekaliya mutaane wa Bebayi; era wamu naye abasaiza abiri mu munaana.12No ku bataabane ba Azugadi, Yokanani mutaane wa Kakatani; era wamu naye abasaiza kikumi na ikumi. 13No ku bataane ba Adonikamu ab'oluvanyuma; era gano niige maina gaabwe, Erifereti, Yeweri, no Semaaya, era wamu nabo abasaiza nkaaga. 14No ku bataane ba Biguvayi, Usayi ne Zabudi; era wamu boona abasaiza nsanvu.15Ne mbakuŋaanyirya ku mwiga ogwaba e Yakava; ne tusiisira ne tumalayo enaku isatu: ne neetegerezya abantu na bakabona, ne ntabonayo n'omumu ku bataane ba Leevi. 16Awo ne ntumya Eryeza, Alyeri, Semaaya, no Erunasani, no Yalibu, no Erunasani, ne Nasani, ne Zekaliya, ne Mesulamu, abasaiza abakulu: era ne Yoyalibu ne Erunasani, abegeresya.17Ne mbatuma okwaba eri Ido, omukulu w'ekifo Kasifiya; ne mbakobera bye babba bakoba Ido na bagande be Abanesinimu, mu kifo ekyo Kasifiya, baleete gye tuli abaweereza ab'omu nyumba ya Katonda waisu.18Awo olw'omukono omusa ogwa Katonda waisu ogwabbaire ku ife ne batuleetera omusaiza ow'amagezi, ow'oku bataane ba Makuli, mutaane wa Leevi, mutaane wa Isiraeri; ne Serebiya na bataane be ne bagande be, ikumi na munaana; 19ne Kasabiya, era wamu naye Yesaya ow'oku bataabane ba Merali, bagande be na bataabane baabwe, abiri; 20no ku Banesinimu, Dawudi n'abakulu be baawaireyo olw'okuweereza Abaleevi, Abanesinimu ebikumi bibiri mu abiri: bonabona ne baatulwa amaina gaabwe.21Awo ne nangirira okusiiba eyo, ku mwiga Akava, twetoowazye mu maiso ga Katonda waisu, okusagira gy'ali engira engolokofu, eyaisu, era ey'abaana baisu abatobato, era ey'ebintu byaisu byonabyona. 22Kubanga ensoni gyankwaite okusaba kabaka ekitongole ky'abasirikale n'abeebagala embalaasi okutuyamba eri abalabe mu ngira: kubanga twabbaire tutumwire no kabaka nti Omukono gwa Katonda waisu gubba ku abo bonabona abamusagira olw'obusa; naye obuyinza bwe n'obusungu bwe buli eri abo bonabona abamuleka. 23Awo ne tusiiba ne tusaba Katonda ekigambo kino: ne tumwegayirira.24Awo ne njawula ikumi na babiri ku bakulu ba bakabona, Serebiya, Kasabiya, n'eikumi ku bagande baabwe wamu nabo, 25ne mbagerera efeeza n'ezaabu n'ebintu, niikyo kiweebwayo olw'enyumba ya Katonda waisu, kabaka n'ebateesya naye n'abakungu be ne Isiraeri yenayena ababbaire eyo bye baawaireyo:26nze ne ngerera dala mu mukono gwabwe talanta egya feeza lukaaga mu ataano, n'ebintu ebya feeza talanta kikumi; zaabu talanta kikumi; 27n'ebibya ebya zaabu amakumi abiri, ebya daliki lukumi; n'ebintu bibiri eby'ebikomo ebisa ebizigule, eby'omuwendo nga zaabu.28Ne mbakoba nti Muli batukuvu eri Mukama, n'ebintu bitukuvu; ne feeza ne zaabu niikyo kiweebwayo ku bwanyu eri Mukama wa bazeiza banyu. 29Mumoge mubikuume okutuusya lwe mulibipima mu maiso g'abakulu ba bakabona n'Abaleevi n'abakulu b'enyumba gya baitawabwe egya Isiraeri mu Yerusaalemi mu bisenge eby'omu nyumba ya Mukama. 30Awo bakabona n'Abaleevi ne batoola feeza ne zaabu n'ebintu ng'obuzito bwabyo bwe bwabbaire okubireeta e Yerusaalemi mu nyumba ya Katonda waisu.31Awo ne tuvaayo ku mwiga Akava ku lunaku olw'eikumi n'eibiri olw'omwezi ogw'oluberyeberye okwaba e Yerusaalemi: n'omukono gwa Katonda waisu gwabbaire ku ife, n'atuwonya mu mukono gw'omulabe n'omutegi mu ngira. 32Ne twiza e Yerusaalemi ne tumalayo ennaku isatu.33Awo ku lunaku olw'okuna ne bapimira feeza ne zaabu n'ebintu mu nyumba ya Katonda waisu okubikwatisya mu mukono gwa Meremoosi mutaane wa Uliya kabona; era wamu naye wabbairewo Ereyazaali mutaane wa Finekaasi; era wamu nabo wabbairewo Yozabadi mutaane wa Yeswa, no Nowadiya mutaane wa Binuyi, Abaleevi; 34byonabyona ng'omuwendo gwabyo era ng'obuzito bwabyo bwe byabbaire; obuzito bwonabwona ne buwandiikibwa mu biseera ebyo.35Abaana b'obusibe abairire ewaabwe gye babbingiirwe ne bawaayo ebiweebwayo ebyokyebwa eri Katonda wa Isiraeri, ente ikumi na ibiri olwa Isiraeri yenayena, entama enume kyenda mu mukaaga, abaana b'entama nsanvu mu musanvu, embuli enume ikumi na ibiri okubba ekiweebwayo olw'ekibbiibi: egyo gyonagyona ne gibba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. 36Ne bawa abaamasaza ebiragiro bya kabaka n'abo abafuga emitala w'omwiga: ne bayamba abantu n'enyumba ya Katonda.
1Awo ebigambo ebyo bwe byakoleibwe, abakulu ne bansemberera nga batumula nti Abantu ba Isiraeri na bakabona n'Abaleevi tebeeyawire na mawanga ag'omu nsi nga bakola okusengererya emizizo gyabwe, egy'Abakanani n'Abakiiti n'Abaperizi n'Abayebusi n'Abamoni n'Abamowaabu n'Abamisiri n'Abamoli. 2Kubanga beekwereire ku bawala baabwe, na bataabane baabwe babakwereireku; kityo eizaire eitukuvu ne lyetabula n'amawanga ag'omu nsi: niiwo awo, omukono gw'abakulu n'abafuga gwe gusingire okwonoona gutyo.3Awo bwe nawuliire ekigambo ekyo, ne nkanula ekivaalo kyange n'omunagiro gwange, ne nkuunyuula enziiri egy'oku mutwe gwange n'egy'omu kirevu kyange, ne ntyama nga nsamaaliriire. 4Awo ne wakuŋaanira gye ndi bonabona abatengerera ebigambo bya Katonda wa Isiraeri olw'okusobya ku abo ab'obusibe; ne ntyama nga nsamaaliriire ne ntuukya ekitone eky'olweigulo.5Awo ekitone eky'olweigulo bwe kyaweweibweyo ne ngolokoka ne nva mu kutoowazibwa kwange, ekivaalo kyange n'omunagiro gwange nga bikanukire; ne nfukamira ku makumbo gange ne nyanjululya engalo gyange eri Mukama Katonda wange; 6ne ntumula nti Ai Katonda wange, nkwatiibwe ensoni, amaiso gange ne gamyuka okuyimusa amaiso gange gy'oli, Katonda wange: kubanga obutali butuukirivu bwaisu bweyongeire okusinga omutwe gwaisu, n'omusango gwaisu gukulire gituukire mu igulu.7Okuva ku naku gya bazeiza baisu nga tukola omusango munene inu ne watyanu; era olw'obutali butuukirivu bwaisu Kyetwaviire tugabulwa, ife, bakabaka baisu na bakabona baisu, mu mukono gwa bakabaka b'ensi, eri ekitala, eri obusibe n'eri okunyagibwa n'amaiso gaisu okukwatibwa ensoni nga watyanu.8Ne atyanu akaseera katono ekisa kiragiibwe ekiva eri Mukama Katonda waisu, okutulekera ekitundu eky'okuwona n'okutuwa eninga mu kifo kye ekitukuvu, Katonda waisu ayakire amaiso gaisu n'okutuwa okuweeraweeraku akatono mu busibe bwaisu. 9Kubanga tuli basibe; naye Katonda waisu tatwawuliire mu bwidu bwaisu, naye atwongeireku okusaasirwa mu maiso ga bakabaka b'e Buperusi, okutuwa okuweeraweera, okusimba enyumba ya Katonda waisu n'okudaabirizya ebyayo ebyagwire n'okutuwa bugwe mu Yuda ne mu Yerusaalemi.10Kale, ai Katonda waisu, twatumula ki oluvannyuma lwa bino? kubanga twalekere ebiragiro byo, 11bye walagiriire mu baidu bo banabbi ng'otumula nti Ensi gye muyingira okugirya nsi eteri nongoofu olw'obutali bulongoofu bw'amawanga ag'omu nsi, olw'emizizo gyabwe, abaagizwirye obugwagwa bwabwe eruuyi n'eruuyi. 12Kale temuwanga bawala banyu bataane baabwe, so temutwaliranga bataane banyu bawala baabwe, so temusagiranga mirembe gyabwe waire omukisa gwabwe emirembe gyonagyona: mubbe n'amaani mulye obusa bw'ensi, mugirekere abaana banyu okubba obusika emirembe gyonagyona.13Era ebyo byonabyona nga bimalire okututuukaku olw'ebikolwa byaisu ebibbiibi n'olw'okwirya omusango omunene, kubanga iwe, Katonda waisu, watubonerezeryeku katono so ti ng'obutali butuukirivu bwaisu bwe bwasaanira, n'otuwa ekitundu ekyekankana awo, 14tulisobya ate amateeka go ne tubba bako b'amawanga agakola eby'emizizo? tewanditusunguwaliire okutuusya lwe wandituzikirizirye, obutabbaawo kitundu ekifiikirewo waire ow'okuwona?15Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, niiwe mutuukirivu; kubanga ife tusigaire ekitundu ekifiikirewo ekiwonere nga bwe kiri watyanu: bona, tuli mu maiso go nga tukolere omusango; kubanga wabula ayinza okwemerera mu maiso go olw'ekyo
1Awo Ezera bwe yabbaire ng'asaba ng'ayatula ng'akunga amaliga ng'avuunamira mu maiso g'enyumba ya Katonda, ne wakuŋŋaanira gy'ali okuva mu Isiraeri ekibiina ekinene einu eky'abasaiza n'abakali n'abaana abatobato: kubanga abantu bakungire inu dala amaliga. 2Awo Sekaniya mutaane wa Yekyeri omumu ku bataane ba Eramu, n'airamu n'akoba Ezera nti Twonoonere Katonda waisu, ne tukwa Abakali banaigwanga ab'oku mawanga ag'omu nsi: naye atyanu eisuubi liriwo eri Isiraeri olw'ekyo.3Kale tulagaane endagaanu no Katonda waisu okubbinga abakali bonabona n'abo be bazaire, ng'okuteesya bwe kuli okwa mukama wange n'abo abatengerera ekiragiro kya Katonda waisu; era kikolebwe ng'amateeka bwe gali. 4Golokoka; kubanga ekigambo kikyo, naife tuli naiwe: guma omwoyo okikole.5Awo Ezera kaisi n'agolokoka, n'alayirya abakulu ba bakabona, Abaleevi ne Isiraeri yenayena, nga bakolanga ng'ekigambo kino bwe kiri. Awo ne balayira. 6Awo Ezera kaisi n'agolokoka okuva mu maiso g'enyumba ya Katonda, n'ayingira mu kisenge kya Yekokanani mutaane wa Eriyasibu: awo bwe yatuukireyo, n'atalya mere so teyanywire maizi: kubanga yanakuwire olw'okusobya ku abo ab'obusibe.7Ne balangirira okubunya Yuda ne Yerusaalemi abaana bonabona ab'obusibe bakuŋaanire e Yerusaalemi; 8era buli ataliiza mu ibbanga ery'ennaku isatu, ng'okuteesya kw'abakulu n'abakaire bwe kwabbaire, afiirwe ebintu bye byonabyona, yeena mweene ayagoteibwe mu kibiina eky'obusibe.9Awo Abasaiza bonabona aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋaanira e Yerusaalemi mu ibbanga ery'enaku isatu; gwabbaire mwezi gwo mwenda, ku lunaku olw'a abiri olw'omwezi: abantu bonabona ne batyama mu kifo ekigazi mu maiso g'enyumba ya Katonda, nga batengera olw'ekigambo ekyo n'olw'amaizi amangi. 10Awo Ezera kabona n'ayemerera n'abakoba nti Mwasoberye ne mukwaa abakali banamawanga okwongera ku Isiraeri omusango.11Kale mwatule eri Mukama Katonda wa bazeiza banyu mukole ebyo by'asiima: mweyawule n'amawanga ag'omu nsi n'abakali banaigwanga.12Awo ekibiina kyonakyona ne bairamu ne batumula n'eidoboozi inene nti Nga bw'otumwire ebigambo byaisu, kityo bwe kitugwanire okukola. 13Naye abantu tuli bangi, era, niibyo ebiseera eby'amaizi amangi, so tetusobola kwemerera wanza, so guno mulimu gwo lunaku lumu oba ibiri: kubanga twasoberye inu mu kigambo ekyo.14Kale abakulu baisu balonderwe ekibiina kyonakyona, n'abo bonabona abali mu bibuga byaisu abakweire abakali banaigwanga baizire mu biseera ebiteekeibwewo, era wamu naabo abakaire ba buli kibuga, n'abalamuzi baakyo, okutuusya Katonda waisu lw'alikyusya ekiruyi kye ekikambwe ne kituvaaku, okutuusya ekigambo kino lwe kyamalibwa. 15Yonasaani mutaane wa Asakeri ne Yazeya mutabani wa Tikuva bonka ne bemerera okugaana ekigambo kino: Mesulamu ne Sabesayi Omuleevi ne babayamba.16Awo abaana b'obusibe ne bakola batyo. Awo Ezera kabona n'abamu ku mitwe gy'enyumba gya baitawabwe ng'enyumba gya baitawabwe bwe gyabbaire, era bonabona ng'amaina gaabwe bwe gabbaire, ne bayawulibwa; ne batuula ku lunaku olw'oluberyeberye olw'omwezi ogw'eikumi okukebera ekigambo ekyo. 17Ne bamala ebigambo by'abasaiza bonabona ababbaire bakweire abakali banaigwanga nga wakaali kubitawo lunaku olw'oluberyeberye olw'omwezi ogw'oluberyeberye.18No mu bataane ba bakabona ne muboneka ababbaire bakweire abakali banaigwanga: ku bataane ba Yesuwa, mutaane wa Yozadaki ne bagande be, Maaseya no Eryeza no Yalibu no Gedaliya. 19Ne bawaayo emikono gyabwe nga babbinga bakali baabwe; era kubanga omusango gubasingire ne bawaayo entama enume ey'omu kisibo olw'omusango gwabwe.20No ku bataane ba Imeri; Kanani no Zebadiya. 21Ne ku bataane ba Kalimu; Maaseya, no Eriya, no Semaaya, no Yekyeri, no Uziya. 22Ne ku bataane ba Pasukuli; Eriwenayi, Maaseya, Isimaeri, Nesaneri, Yozabadi, no Erasa.23No ku Baleevi; Yozabadi, no Simeeyi, no Keraya (oyo niiye Kerita), Pesakiya, Yuda, no Eryeza. 24Ne ku bembi; Eriyasibu: n ku baigali; Salumu, no Teremu no Uli. 25No ku Isiraeri: ku bataane ba Palosi; Lamiya, ne Izziya, no Malukiya no Miyamini, ne Ereyazaali, no Malukiya, no Benaya.26No ku bataane ba Eramu; Mataniya, Zekkaliya, no Yekyeri, no Abudi, no Yeremoosi, no Eriya. 27No ku bataane ba Zatu; Eriwenayi, Eriyabu, Mataniya, no Yeremoosi, no Zabadi no Aziza. 28No ku bataane ba Bebayi; Yekokanani, Kananiya, Zabayi, Asulaayi. 29No ku bataane ba Bani; Mesulamu, Maluki, no Adaya, Yasubu, no Seyaali, Yeremoosi.30No ku bataane ba Pakasumowaabu; Aduna, no Kerali, Benaya, Maaseya, Mataniya, Bezaleeri, no Binnuyi, no Manase. 31No ku bataane ba Kalimu; Eryeza, Isusiya, Malukiya, Semaaya, Simyoni; 32Benyamini, Malluki, Semaliya.33Ku batabani ba Kasumu; Matenayi, Matata, Zabadi, Erifereti, Yeremayi, Manase, Simeeyi. 34Ku batabani ba Baani; Maadayi, Amulaamu, no Uweri; 35Benaya; Bedeya, Keruki; 36Vaniya, Meremoosi, Eriyasibu;37Mataniya, Mattenayi, no Yaasu; 38no Baani, no Binnuyi, Simeeyi; 39no Seremiya, no Nasani, no Adaya; 40Makunadebayi, Sasayi, Salaayi;41Azaleri, no Seremiya, Semaliya; 42Salumu, Amaliya, Yusufu. 43Ku batabani ba Nebo; Yeyeri, Mattisiya, Zabadi, Zebina, Iddo, no Yoweeri, Benaya. 44Abo bonabona babbaire bakweire abakali banaigwanga: era abandi ku bo babbaire balina abakali be bazaire mu abaana.
1Awo olwatuukire ku miretnbe gya Akaswero (niiye Akaswero oyo eyafugire okuva e Buyindi okutuuka e Bwesiyopya, amasaza kikumi mu abiri mu musanvu:) 2awo ku mirembe egyo, kabaka Akaswero bwe yatyaime ku ntebe y'obwakabaka bwe eyabbaire mu lubiri lw’e Susani,3mu mwaka ogw'okusatu ogw'okufuga kwe n'afumbira embaga abakungu be bonabona n'abaidu be; obuyinza bw'e Buperusi n'e Bumeedi, abakungu n'abakulu b'amasaza nga bali mu maiso ge: 4n'ayoleserya enaku nyingi obugaiga obw'obwakabaka bwe obw'ekitiibwa n'eitendo ery'obukulu bwe obutasingika, enaku kikumi mu kinaana.5Awo enaku egyo bwe gyatuukiriire, kabaka n'afumbira embaga abantu bonabona ababbaire bali awo mu lubiri w'e Susani, abakulu n'abatobato, enaku musanvu, mu luya olw'oku lusuku olw'olubiri lwa kabaka; 6wabbairewo ebitimbe eby'engoye olweru n'olwa nawandagala n'olwa kaniki, nga bisibiibwe n'emiguwa egya bafuta ensa n'olw'efulungu n'empeta egya feeza n'empagi egy'amabbaale aganyirira: ebitanda byabbaire bya zaabu ne feeza ku mabbaale amaalirire aganyirira, amamyufu n'ameeru n'age kyenvu n'amairugavu.7Ne babanywesya mu bintu ebye zaabu, (ebintu nga tebifaanana byonka na byonka,) n'omwenge ogwa kabaka mungi inu, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwabbaire. 8N'okunywa ne kubba ng'amateeka bwe gali; nga wabula ayinza okuwalirizya: kubanga kabaka bwe yabbaire alagiire atyo abaami bonabona ab'omu nyumba ye bakolenga buli muntu nga bw'ayatakire:9Ne Vasuti kadulubaale n'afumbira abakali embaga mu nyumba ya kabaka, eya kabaka Akaswero: 10Awo ku lunaku olw'omusanvu, omwoyo gwa kabaka bwe gwasanyukire olw'omwenge, n'alagira Mekumani no Bizusa no Kalubona no Bigusa no Abagusa no Zesali no Kalukasi, abalaawe musanvu abaaweererezanga mu maiso ga Akaswero kabaka, 11okuteeta Vasuti kadulubaale mu maiso ga kabaka ng'atikiire engule ey'obwakabaka okwolesya amawanga n'abakungu okusa bwe kubanga yabbaire musa okulingirira:12Naye kadulubaale Vasuti n'agaana okwiza olw'ekiragiro kya kabaka bwe yamulagirizirye abalaawe: kabaka Kyeyaviire asunguwala inu, ekiruyi kye ne kibuubuuka mu iye.13Awo kabaka n'akoba abagezi abaategeera ebiseera, (kubanga eyo niiyo yabbaire empisa ya kabaka eri bonabona abaamanyire amateeka n'emisango; 14no Kalusena no Sesali no Adumasa no Talusiisi no Melesi no Malusema ne Memukani, abakungu musanvu ab'e Buperusi n'e Bumeedi; abaalabanga amaiso ga kabaka era abaatyamanga ku ntebe egy'oku mwanjo mu bwakabaka, abo niibo baamwiriire:) nti 15Twakola tutya kadulubaale Vasuti ng'amateeka bwe gali, kubanga takolere ekyo kabaka Akaswero ky'amulagirizirye abalaawe?16Awo Memukani n'airamu mu maiso ga kabaka n'abakungu nti Vasuti kadulubaale tayonoonere kabaka yenka era naye n'abakungu bonana n'amawanga gonagona agali mu masaza gonagona aga kabaka Akaswero. 17Kubanga ekikolwa kino ekya kadulubaale kiryatiikirira mu bakali bonabona okunyoomesyanga baibawabwe mu maiso gaabwe bwe kyakoberwanga nti Kabaka Akaswero yalagiriire Vasuti kadulubaale okuleetebwa mu maiso ge naye n'ataiza. 18Awo ku lunaku luno abakyala ab’e Buperusi n'e Bumeedi abawuliire ekikolwa kya kadulubaale bakoba batyo abakungu bonabona aba kabaka: Kale walibbaawo okunyooma kungi n'obusungu.19Kabaka bw'eyasiima atyo, alaaliike ekiragiro kya kabaka, era kiwandiikibwe mu mateeka aga Abaperusi n'Abameedi kireke okuwaanyisibwa, Vasuti aleke okwiza ate mu maiso ga kabaka Akaswero; era n'obukulu bwe obwa kadulubaale kabaka abuwe ogondi amusinga obusa. 20Awo bwe balaaliika eiteeka lya kabaka ly'ayateeka okubunya obwakabaka bwe bwonabwona, (kubanga bunene,) kale abakali bonabona bateekangamu ekitiibwa baibawabwe, abakulu n'abatobato.21Ekigambo ekyo ne kisanyusya kabaka n'abalangira; kabaka n'akola ng'ekigambo kya Memukani bwe kyabbaire: 22kubanga yaweerezerye ebaluwa mu masaza gonagona aga kabaka; mu buli isaza ng'empandiika yaalyo bwe yabbaire, na buli igwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwabbaire, buli musaiza afugenga mu nyumba ye iye, era akiraalike ng'olulimi lw'abantu be bwe lwabbaire.
1Awo oluvanyuma lw'ebyo, obusungu bwa kabaka Akaswero bwe bwaikaikaine, kaisi naijukira Vasuti n'ekyo kye yakolere n'ekyo ekyateekeibwe eri iye. 2Awo abaidu ba kabaka abaamuweerezyanga ne batumula nti Basagirire kabaka abawala abatobato abasa abatamaite musaiza:3era kabaka ateekewo abaami mu masaza gonagona ag'omu bwakabaka bwe, bakuŋaanyirye abawala abatobato abasa bonabona e Susani mu lubiri mu nyumba y'abakali, mu mukono gwa Kegayi omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakali; era ebintu byabwe eby'okulongoosa babiweebwe: 4awo omuwala kabaka gw'alisiima abbe kadulubaale mu kifo kya Vasuti. Ekigambo ekyo ne kisanyusya kabaka; n'akola atyo.5Wabbairewo Omuyudaaya mu Susani mu lubiri, eriina lye Moludekaayi mutaane wa Yayiri mutaane wa Simeeyi mutaane wa Kiisi Omubenyamini; 6eyatoleibwe mu Yerusaalemi wamu n'abasibe abaatwaliirwe awamu ne Yekoniya kabaka wa Yuda, Nebukaduneeza kabaka w'e Babulooni gwe yatwaire.7N'alera Kadasa, niiye Eseza muwala wa itaaye omutomuto: kubanga teyabbaire no itaaye waire maye, era omuwala oyo yabbaire musa inu; awo maye no itaaye bwe bafiire, Moludekaayi n'amutwala okubba omwana we iye.8Awo olwatuukire ekiragiro kya kabaka n'eiteeka lye bwe byawuliirwe, n'abawala bangi nga bakuŋaanire e Susani mu lubiri mu mukono gwa Kegayi, awo Eseza n'atwalibwa mu nyumba ya kabaka mu mukono gwa Kegayi omukuumi w'abakali. 9Awo omuwala oyo n'amusanyusya, n'afuna ekisa eri iye; n'ayanguwa okumuwa ebintu bye eby'okulongoosya wamu n'emigabo gye n'abawala omusanvu abaagwaniire okubamuwa nga batoolebwa mu nyumba ya kabaka: n'amwijulula iye n'abawala be n'abayingirya mu kifo ekyasingire obusa mu nyumba ey'abakali.10Eseza yabbaire tategeezanga abantu be bwe babbaire waire ekika kye: kubanga Moludekaayi yabbaire amukuutiire obutakitegeeza. 11Era Moludekaayi n'atambuliranga buli lunaku mu maiso g'oluya lw'enyumba ey'abakali, okumanya Eseza bw'ali, era ky'alibba.12Awo ekiwu kya buli muwala bwe kyaizire okuyingira eri kabaka Akaswero, ng'amalire okukolerwa ng'eiteeka ery'abakali bwe liri emyezi ikumi n'eibiri, (kubanga enaku egy'okulongoosa kwabwe bwe gyatuukiriranga ityo, emyezi mukaaga amafuta ag'omusita, n’emyezi mukaaga eby'akaloosa n'ebintu eby'okulongoosa abakali,) 13kale atyo omuwala kaisi naiza eri kabaka, kyonakyona kye yatakire n'akiweebwa okwaba naye ng'ava mu nyumba ey'abakali ng'ayaba mu nyumba ya kabaka.14Yayabire akawungeezi n'airawo amakeeri mu nyumba ey'abakali ey'okubiri mu mukono gwa Saasugazi omulaawe wa kabaka eyakuumanga abazaana: teyayingiire ate eri kabaka, wabula nga kabaka amusanyukiire, era ng'ayeteibwe n'eriina.15Awo oluwalo lwa Eseza omuwala wa Abikayiri itaaye wa Moludekaayi omutomuto eyamutwaire okubba omwana we bwe lwabbaire lutuukire, okuyingira eri kabaka, teyabbaire ku kye yeetaagire wabula ebyo Kegayi, omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakali, bye yalagiire. Eseza n'aganja mu maiso g'abo bonabona abaamulingiriire. 16Awo Eseza n'atwalibwa eri kabaka Akaswero mu nyumba ye eya kabaka mu mwezi ogw'eikumi, niigwo mwezi Tebesi mu mwaka ogw'omusanvu ogw'okufuga kwe.17Awo kabaka n'ataka Eseza okusinga abakali bonabona, n'abona ekisa n'okuganja mu maiso ge okusinga abawala bonabona: n'okuteeka n'ateeka engule ey'obwakabaka ku mutwe gwe n'amufuula kadulubaale mu kifo kya Vasuti. 18Awo kabaka n'afumbira abakungu be bonabona n'abaidu be embaga enkulu, embaga ya Eseza; n'awa amasaza okusonyiyibwa, n'agaba ebirabo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwabbaire.19Awo abawala bwe babbaire bakuŋaanire omulundi ogw'okubiri, awo Moludekaayi n'atyama mu mulyango gwa kabaka. 20Eseza yabbaire tategeezanga ekika kye bwe kyabbaire waire abantu be; nga Moluddeksayi bwe yamukuutiire: kubanga Eseza yakolere ekiragiro kya Moludekaayi nga bwe yakolanga bweyabbaire ng'akaali amulera. 21Awo mu biseera ebyo, Moludekaayi ng'atyaime mu mulyango gwa kabaka, babiri ku balaawe ba kabaka, Bigusani no Teresi, ku abo abaakuumanga olwigi, ne basunguwala ne bagezyaku okukwata kabaka Akaswero.22Awo ekigambo ekyo ne kimanyibwa Moludekaayi n'akikobera Eseza kadulubaale; Eseza n'akobera kabaka mu liina lya Moludekaayi. 23Awo ekigambo ekyo bwe baakikeneenyere, ne kiboneka nga bwe kyabbaire kityo, bombiri ne bawanikibwa ku musaale: awo ne kiwandiikibwa mu kitabo eky'ebigambo ebya buli lunaku mu maiso ga kabaka.
1Awo oluvanyuma lw'ebyo kabaka Akaswero n'akulya Kamani mutaane wa Kamedasa Omwagaagi n’amusukirirya, n'agulumizya entebe ye okusinga abakungu bonabona ababbaire naye. 2Awo Abaidu bonabona aba kabaka ababbaire mu mulyango gwa kabaka ne bakutamira Kamani ne bamuvuunamira: kubanga kabaka bwe yabbaire alagiire atyo ebigambo bye. Naye Moludekaayi teyamukutamiire so teyamuvuunamiire.3Awo Abaidu ba kabaka ababbaire mu mulyango gwa kabaka ne bakoba Moludekaayi nti Kiki ekikusobeserye ekiragiro kya kabaka? 4Awo olwatuukire bwe batumulanga naye buli lunaku naye n'atabawulira, ne babuulira Kamani okubona ebigambo bya Moludekaayi oba nga byanywera: kubanga yabbaire ababuuliire nga Muyudaaya.5Awo Kamani bwe yaboine nga Moludekaayi teyamutire so teyamuvuunamiire, kale Kamani n’aizula obusungu. 6Naye n'abona nga tekugasa okukwata Moludekaayi yenka; kubanga babbaire bamutegeezerye abantu ba Moludekaayi bwe baali: Kamani Kyeyaviire asala amagezi okuzikirizya Abayudaaya bonabona abaali mu bwakabaka bwonabwona obwa Akaswero, abantu ba Moludekaayi.7Awo mu mwezi ogw'olubereberye, niigwo mwezi Nisani, mu mwaka ogw'eikumi n’eibiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakubba Puli, niibwo bululu, mu maiso ga Kamani buli lunaku era buli mwezi okutuusya ku mwezi ogw'eikumi n'eibiri, niigwo mwezi Adali.8Awo Kamani n'akoba kabaka Akaswero nti Waliwo abantu abasasaine abataataaganire mu mawanga mu masaza gonagona ag'obwakabaka bwo; n'amateeka gaabwe tegafaanana mateeka ge igwanga lyonalyona; so tebakwata mateeka ga kabaka; kyekiva kireka okugasa kabaka okubaganya. 9Kabaka bw'eyasiima, kiwandiikibwe bazikirizibwe: nanze ndisasula etalanta egya feeza mutwalo mu mikono gy'abo abagisisiibwe okukuuma omulimu (gwa kabaka), okugireeta mu mawanika ga kabaka.10Awo kabaka n'atoola empeta ye ku mukono gwe n'agiwa Kamani mutaane wa Kamedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya. 11Awo kabaka n'akoba Kamani nti Efeeza eweereibwe gy'oli era n'abantu okubakola nga bw'osiima.12Awo ne beeta abawandiiki ba kabaka mu mwezi ogw'oluberyeberye ku lunaku lwagwo olw'eikumi n'eisatu, ne bawandiika nga byonabyona bwe byabbaire Kamani bye yabbaire alagiire abaamasaza ba kabaka, n'abaami abaafuganga buli isaza n'abakulu ba buli igwanga; eri buli isaza ng'empandiika yaalyo bwe yabbaire, n'eri buli igwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwabbaire: mu liina lya kabaka Akaswero mwe byawandiikiirwe, era byateekeibweku akabonero n'empeta ya kabaka. 13Ne baweererya ebbaluwa ne gitwalibwa ababaka mu masaza gonagona aga kabaka, okuzikirizya n'okwita n'okumalawo Abayudaaya bonabona, abatobato n'abakaire, abaana abatobato n'abakali, ku lunaku lumu, ku lunaku olw'eikumi n'eisatu olw'omwezi ogw’eikumi n'ebbiri, niigwo mwezi Adali, n'okutwala omunyago gwabwe okubba omuyiggo.14Ebyatoleibwe mu kiwandiiko ne biraaliikibwa eri amawanga gonagona, ekiragiro kirangirirwe mu buli isaza, kaisi beeteekereteekere olunaku olwo. 15Awo ababaka ne banguwa ne baaba olw'ekiragiro kya kabaka, eiteeka ne libuulirwa mu lubiri lw’e Susani: awo kabaka no Kamani ne batyama okunywa; naye ekibuga kya Susani ne kibulwa amagezi.
1Awo olwatuukire ku lunaku olw'okusatu Eseza n'avaala ebivaalo bye ebya kadulubaale, n'ayemerera mu luya olw'omukati olw'ennyumba ya kabaka, okwolekera enyumba ya kabaka: kabaka n'atyama ku ntebe ye ey'obwakabaka mu nyumba ya kabaka okwolekera omulyango gw'enyumba. 2Awo olwatuukire kabaka bwe yaboine Eseza kadulubaale ng'ayemereire mu luya, kale n'aganja mu maiso ge: kabaka n'agololera Eseza omwigo ogwa zaabu ogwabbaire mu mukono gwe. Awo Eseza n'asembera n'akwata ku musa gw'omwigo.3Awo kabaka kaisi n'amukoba nti Otaka ki, kadulubaale Eseza? era kiriwa kye weegayirira? wakiweebwa ne bwe kyabba ekitundu ky'obwakabaka. 4Awo Eseza n'atumula nti Kabaka bw'eyasiima, kabaka no Kamani baize atyanu eri embaga gye mufumbiire.5Awo kabaka n'atumula nti Mwanguye Kamani kikolebwe nga Eseza bw'atumwire. Awo kabaka no Kamani ne baiza eri embaga Eseza gye yabbaire afumbire. 6Awo kabaka n'akoba Eseza nga batyaime ku mbaga ey'omwenge nti Osaba ki? era kyakukolerwa; era weegayirira ki? kyatuukirizibwa ne bwe kyabba ekitundu ky'obwakabaka.7Awo Eseza n'airamu n'atumula nti Kye nsaba era kye neegayirira niikyo kino; 8oba nga ŋanjire mu maiso ga kabaka, era kabaka bweyasiima okumpa kye nsaba, n'okutuukirizya kye neegayirira, kabaka no Kamani baize eri embaga gye ndibafumbira, era eizo ndikola nga kabaka bw'akobere.9Awo Kamani n'afuluma ku lunaku olwo ng'asanyukire era ng'ajaguzirya mu mwoyo: naye Kamani bwe yaboine Moludekaayi mu mulyango gwa kabaka, nga tayemerera so nga tamusegulira, n'aizula obusungu eri Moludekaayi. 10Era naye Kamani n'azibiikirizya n'airayo eika; n'atuma n'aleeta mikagwa gye no Zeresi mukali we. 11Awo Kamani n'abakobera ekitiibwa ky'obugaiga bwe, n'abaana be bwe bekankana obungi, n'ebigambo byonabyona kabaka mwe yamukuliirye, era bwe yamukulirye okusinga abakungu ba kabaka n'abaidu be.12Era Kamani n'atumula nti niiwo awo, Eseza kadulubaale teyaganyire muntu yenayena kuyingira wamu no kabaka eri embaga gye yabbaire afumbire wabula nze; era n'eizo anjetere wamu no kabaka. 13Naye ebyo byonabyona bibulaku kye bingasa nga nkaali mbona Moludekaayi Omuyudaaya ng'atyama ku mulyango gwa kabaka.14Awo Zeresi mukali we ne mikagwa gye bonabona ne bamukoba nti Basimbe ekitindiro obuwanvu bwakyo emikono ataanu, eizo oyogere no kabaka okuwanika Moludekaayi okwo: kale kaisi oyingire no kabaka eri embaga ng'osanyuka Ekigambo ekyo ne kisanyusya Kamani; n'asimbya ekitindiro.
1Awo mu bwire obwo kabaka n'atasobola kugona; n'alagira okuleeta ekitabo ekijukirya eky'ebigambo ebya buli lunaku, ne babisomera mu maiso ga kabaka. 2Awo ne basanga nga kiwandiikiibwe nga Moludekaayi yakoleire ebigambo bya Bigusani no Teresi, babiri ku balaawe ba kabaka ku abo abaakuumanga olwigi, abaagezeryeku okukwata kabaka Akaswero. 3Awo kabaka n'atumula nti Kitiibwa ki na bukulu ki Moludekaayi bye yaweweibwe olw'ekyo? Awo abaidu ba kabaka abaamuweerezyanga ne batumula nti Wabula kintu kyaweweibwe.4Awo kabaka n'atumula nti Yani ali mu luya? Kale Kamani yabbaire atuukire mu luya olw'ewanza olw'oku nyunba ya kabaka, okutumula no kabaka okuwanika Moludekaayi ku kitindiro kye yabbaire amusimbiire. 5Awo abaidu ba kabaka ne bamukoba nti bona, Kamani ayemereire mu luya. Kabaka n’atumula nti Ayingire. 6Awo Kamani n'ayingira Kabaka n'amukoba nti Omusaiza kabaka gw'asanyukira okumuteekamu ekitiibwa yakolebwa ki? Awo Kamani n'atumula mu mwoyo gwe nti Yani kabaka gwe yandisanyukiire okumuteekamu ekitiibwa okusinga nze?7Awo Kamani n'akoba kabaka nti Omusaiza kabaka gw'asanyukira okumuteekamu ekitiibwa, 8baleete ebivaalo bya kabaka, kabaka by'avaala, n'embalaasi kabaka gye yeebagala edi etikirwaku ku mutwe engule ey'obwakabaka; 9bawe ebivaalo n'embalaasi mu mukono gw'omumu ku bakungu ba kabaka abasinga ekitiibwa, bavaalisye n'ebyo omusaiza kabaka gw'asanyukira okumuteekamu ekitiibwa, era bamwebagalye embalaasi okubita mu luguudo olw'ekibuga, era balangirire mu maiso ge nti Atyo bweyakolebwa omusaiza kabaka gw'asanyukira okumuteekamu ekitiibwa.10Awo kabaka n'akoba Kamani nti Yanguwa okwate ebyambalo n'embalaasi nga bw'otumwire, okolere dala otyo Moludekaayi Omuyudaaya atyama ku mulyango gwa kabaka: waleke okubulaku n'ekimu ku ebyo byonabyona by'otumwire. 11Awo Kamani n'akwata ebivaalo n'embalaasi, n'avaalisya Moludekaayi, n'amuvalisya okubita mu luguudo olw'ekibuga, n'alangirira mu maiso ge nti Atyo bweyakolebwa omusaiza kabaka gw'asanyukira okumuteekamu ekitiibwa.12Awo Moludekaayi n'aira eri omulyango gwa kabaka. Naye Kamani n'ayanguwa n’ayaba ewuwe, ng'anakuwaire era ng'abiikire ku mutwe gwe. 13Awo Kamani n'akobera Zeresi mukali we no mikago gye bonabona byonabyona ebyamubaireku. Awo Abasaiza be abagezi no Zeresi mukali we ne bamukomba nti Moludekaayi gw'otanuliire okugwa mu maiso ge, oba nga wo ku izaire lya Bayudaaya, toiza kumusinga, naye tolirema kugwa mu maiso ge. 14Awo bwe babbaire nga bakaali batumula naye, abalaawe ba kabaka ne baiza, ne banguwa okuleeta Kamani eri embaga Eseza gye yabbaire afumbire.
1Awo kabaka no Kamani ne baiza eri embaga wamu no Eseza kadulubaale. 2Awo kabaka n'ankoba ate Eseza ku lunaku olw'okubiri nga batyaime ku mbaga ey'omwenge nti Kiki ky'osaba, kadulubaale Eseza, era wakiweebwa: era kiki kye weegayirira? ne bwe kyabba ekitundu ky'obwakabaka kyatuukirizibwa.3Awo Eseza kadulubaale n'airamu n'atumula nti Oba nga ŋanjire mu maiso go, ai kabaka, era kabaka bw'eyasiima, mpeebwe obulamu bwange olw'okusaba kwange, n'abantu bange olw'okwegayirira kwange: 4kubanga tutundiibwe, nze n'abantu bange okuzikirizibwa, okwitibwa n'okugota. Naye singa tutundiibwe okubba abaidu n'abazaana, nandisirikire, waire ng'omulabe teyandisoboire kuliwa kabaka bye yandifiiriirwe. 5Awo kabaka Akaswero n'alyoka ayogera n'akoba Eseza kadulubaale nti Yani era ali aliwaina atandika okugezyaku mu mwoyo gwe okukola atyo?6Awo Eseza n'atumula nti Omulabe era, atukyawa, Kamani ono omubbiibi. Awo Kamani n'atya mu maiso ga kabaka no kadulubaale. 7Awo kabaka n'agolokoka ng'aliku ekiruyi n'ava ku mbaga ey'omwenge n'ayingira mu lusuku olw'omu lubiri: Kamani n'ayemerera okusaba obulamu bwe eri Eseza kadulubaale; kubanga yaboine obubbiibi kabaka bw'amugisisirye.8Awo kabaka n'aira ng'ava mu lusuku olw'omu lubiri n'ayingira mu kifo eky'embaga ey'omwenge; kale Kamani ng'atyaime ku kitanda Eseza kwe yabbaire. Awo kabaka n'atumula nti N'okukwata eyakwatira kadulubaale mu maiso gange mu nyumba? Ekigambo nga kiva mu munwa gwa kabaka, ne baboneka ku maiso ga Kamani.9Awo Kalubona, omumu ku balawe ababbaire mu maiso ga kabaka, n'atumula nti Era, bona, ekitindiro, obuwanvu bwakyo emikono ataanu Kamani kyakoleire Moludekaayi, eyatumwire olwa kabaka ebisa, kyemereire mu nyumba ya Kamani. Kabaka n'atumula nti Mumuwanike okwo. 10Awo ne bawanika Kamani ku kitindiro kye yabbaire asimbiire Moludekaayi. Awo obusungu bwa kabaka ne bwikaikana.
1Awo ku lunaku olwo kabaka Akaswero n'awa Eseza kadulubaale enyumba ya Kamani omulabe w'Abayudaaya. Awo Moludekaayi n'aiza mu maiso ga kabaka; kubanga Eseza yabbaire amukobeire bwe yamuli. 2Awo kabaka n'anaanuula empeta ye gy'atoire ku Kamani n'agiwa Moludekaayi. Awo Eseza n'ateeka Moludekaayi okubba omukulu w'enyumba ya Kamani.3Awo Eseza n'atumula ate olw'okubiri mu maiso ga kabaka, n'avuunama awali ebigere bye n'amwegayirira ng'akunga amaliga okutoolawo obubbiibi bwa Kamani Omwagaagi n'olukwe lwe lwe yabbaire asaliire Abayudaaya. 4Awo kabaka n'agololera Eseza omwigo ogwa zaabu. Awo Eseza n'agolokoka n'ayemera mu maiso ga kabaka.5N'atumula nti Kabaka bw'eyasiima, era oba nga ngnjire mu maiso ge, n'ekigambo ekyo bwe kyafaanana eky'ensonga mu maiso ga kabaka, nzena oba nga musanyusya, bawandiike okwijulula ebbaluwa Kamani mutaane wa Kamedasa Omwagagi gye yateeserye, gye yawandiikire okuzikirizya Abayudaaya ababbaire mu masaza gonagona aga kabaka: 6kubanga nyinza ntya okugumiinkiriza okulingirira obubbiibi obuliiza ku bantu bange? oba nyinza ntya okugumiinkiriza, okulingirira Bagande bange nga babazikirizya?7Awo kabaka Akaswero n'akoba Eseza kadulubaale no Moludekaayi Omuyudaaya nti Bona, mpaire Eseza enyumba ya Kamani, yeena bamuwanikire ku kitindiro, kubanga yateekere omukono gwe ku Bayudaaya. 8Era muwandiikire n'Abayudaaya, nga bwe musiima, mu liina lya kabaka, mugiteekeku akabonero n'empeta ya kabaka kubanga ekiwandiiko ekiwandiikiibwe mu liina lya kabaka era ekiteekeibweku akabonero n'empeta ya kabaka, wabula muntu asobola okukiijulula.9Awo mu biseera ebyo ne beeta abawandiiki ba kabaka mu mwezi ogw'okusatu, niigwo mwezi Sivaani, ku lunaku lwagwo olwa abiri mu satu; era byonabyona ne biwandiikibwa Moludekaayi bye yalagiire eri Abayudaaya n'eri abaamasaza, n'abaami abaafuganga n'abakulu b'amasaza ababbairewo okuva e Buyindi okutuusya ku Bwesiyopya, amasaza kikumi mu abiri mu musanvu, eri buli isaza ng'empandiika yaalyo bwe yabbaire, n'eri buli igwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwabbaire, n'eri Abayudaaya ng'empandiika yaabwe bwe yabbaire era ng'olulimi lwabwe bwe lwabbaire.10Era n'awandiika mu liina lya kabaka Akaswero n'agiteekaku akabonero n'empeta ya kabaka n'aweerezya ebbaluwa egitwalibwa ababaka abeebagala embalaasi, abeebagaire ebisolo eby'embiro ebyakolanga omulimu gwa kabaka, ebyazaaliibwe mu bisibo bya kabaka: 11era mu egyo kabaka n'alagira Abayudaaya ababbaire mu buli kibuga okukuŋaana n'okwesibira obulamu bwabwe okuzikirizya, okwita, n'okumalawo obuyinza bwonabwona obw'abantu n'eisaza abataka okubalumba, abaana baabwe abatobato na bakali baabwe, n'okutwala omunyago gwabwe okubba omuyigo, 12ku lunaku lumu mu masaza gonagona aga kabaka Akaswero, ku lunaku olw'eikumi n'eisatu olw'omwezi ogw'eikumi n'eibiri, niigwo mwezi Adali.13Awo ne baboneka amawanga gonagona ebyatooleibwe ku kiwandiiko, ekiragiro kirangirirwe mu buli isaza, era Abayudaaya babbe nga beeteekeireteekeire olunaku olwo okuwalana eigwanga ku balabe baabwe. 14Awo ababaka abeebagala ebisolo eby'embiro ebyakolanga omulimu gwa kabaka ne babona, ekiragiro kya kabaka nga kibakubbirizya era nga kibanguya; awo ekiragiro ne kirangirirwa mu lubiri lw’e Susani.15Awo Moludekaayi n'afuluma mu maiso ga kabaka ng'avaire ebivaalo bya kabaka ebya kaniki n'ebyeru, era ng'atikiire engule enene eya zaabu, era ng'avaire omunagiro ogwa bafuta ensa n'olugoye olw'efulungu: awo ekibuga Susani ne kitumulira waigulu ne kisanyuka. 16Awo Abayudaaya ne babba n'omusana n'eisanyu, n'okujaguza n’ekitiibwa. 17Awo mu buli isaza no mu buli kibuga, ekiragiro kya kabaka n'eiteeka lye buli gye byatuukanga, Abayudaaya ne babba n'eisanyu n'okujaguza, embaga n'olunaku olusa. Kale bangi ab'omu mawanga ag'omu nsi ne bafuuka Abayudaaya; kubanga entiisya ey'Abayudaaya yali ebagwireku.
1Awo mu mwezi ogw'eikumi n'eibiri, niigwo mwezi Adali, ku lunaku lwagwo olw'eikumi n'eisatu, ekiragiro kya kabaka n'eiteeka lye bwe byabbaire biri kumpi okutuukirizibwa, ku lunaku abalabe b'Abayudaaya kwe baasuubiriire okubafuga; naye ne kikyuka okubeevuunulira, Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa; 2awo Abayudaaya ne bakuŋaana mu bibuga byabwe okubuna amasaza gonagona aga kabaka Akaswero, okukwata abo ababbaire bataka okubakola okubbiibi: so wabula muntu eyasoboire okubaziyiza; kubanga entiisya yaabwe yabbaire egwire ku mawanga gonagona.3Awo abalangira bonabona abaamasaza n'abasigire n'abaami abaafuganga n'abo abaakolanga omulimu gwa kabaka ne bayamba Abayudaaya; kubanga entiisya ya Moludekaayi ng'ebagwieku. 4Kubanga Moluddekaayi yabbaire mukulu mu nyunba ya kabaka, n'eitutumu lye ne lyatiikirira okubuna amasaza gonagona: kubanga omusajja oyo Moludekaayi yeeyongerayongeranga. 5Awo Abayudaaya ne baita abalabe baabwe bonabona nga babakubba n'ekitala, nga babazikirizya nga babamalawo, ne bakola nga bwe batakire abo abaabakyawire.6No mu lubiri lw'e Susani Abayudaaya ne baita ne bazikirizya Abasaiza bitaanu. 7Awo Palusandasa ne Dalufoni ne Asupasa 8ne Polasa ne Adaliya ne Alidasa 9ne Palumasuta ne Alisayi ne Alidayi ne Vaizasa, 10batabani ba Kamani eikumi mutaane wa Kammedasa omulabe w'Abayudaaya ne babaita; naye ne batateekaku mukono gwabwe ku munyago.11Ku lunaku olwo omuwendo gw'abo abatiirwe mu lubiri lw'e Susani ne guleetebwa mu maiso ga kabaka. 12Awo kabaka n'akoba Eseza kadulubaale nti Abayudaaya baitire bazikirizirya Abasaiza bitaanu mu lubiri lwe Susani na bataane ba Kamani eikumi; kale kye bakolere mu masaza agandi aga kabaka kyekankana wa! Kiki ky'osaba? era wakiweebwa: oba kiki kye weegayirira ate? era kyakolebwa.13Awo Eseza n'atumula nti Kabaka bw'eyasiima, Abayudaaya abali mu Susani baweebwe okukola n'eizo ng'ekiragiro ekya atyanu bwe kibaire, era batataane ba Kamani eikumi bawanikibwe ku kitindiro. 14Awo kabaka n'alagira bakole batyo: kale ne balangirira eiteeka mu Susani; ne bawanika bataane ba Kamani eikumi.15Awo Abayudaaya ababbaire mu Susani ne bakuŋaanira no ku lunaku olw'eikumi n'eina olw'omwezi Adali, ne baita Abasaiza bisatu mu Susani; naye ne batateekaku mukono gwabwe ku munyago. 16Awo Abayudaaya abandi ababbaire mu masaza ga kabaka ne bakuŋaana ne beesibira obulamu bwabwe, ne babba n'okuwummula eri abalabe baabwe, ne baita ku ibo abaabakyawa emitwalo musanvu mu enkumi itaanu; naye ne batateekaku mukono gwabwe ku munyago.17Ebyo byabbairewo ku lunaku lw'eikumi n'eisatu olw'omwezi Adali; no ku lunaku lwagwo olw'eikumi n'eina ne bawummula; ne balufuula olunaku olw'okuliiraku embaga n'olw'okusanyukiraku. 18Naye Abayudaaya ababbaire mu Susani ne bakuŋaanira ku lunaku lwagwo olw'eikumi n'eisatu no ku lunaku lwagwo olw'eikumi n'eina; no ku lunaku lwagwo w'eikumi n'eitaanu ne bawumula ne balufuula olunaku olw'okuliiraku embaga n'olw'okusanyukiraku. 19Abayudaaya ab'omu byalo abaabbanga mu bibuga ebibulaku bugwe kyebaviire bafuula olunaku olw'eikumi n'eina olw'omwezi Adali olunaku olw'okusanyukiraku n'okuliiraku embaga era olunaku olusa era olw'okuweerezyaganiraku emigabo.20Awo Moludekaayi n'awandiika ebyo, n'aweererya ebbaluwa Abayudaaya bonabona ababbaire mu masaza gonagona aga kabaka Akaswero, ab'okumpi n'ab'ewala, 21okubalagira okukwatanga olunaku olw'eikumi n'eina olw'omwezi Adali, n'olunaku lwagwo olw'eikumi n'eitaanu, buli mwaka, 22nga niigyo enaku Abayudaaya kwe baafuniire okuwumula eri abalabe baabwe, n'omwezi ogwabafuukiire ogw'eisanyu okuva mu bwinike, era olunaku olusa okuva mu kunakuwala: bagifuulenga enaku egy'okuliirangaku embaga n'egu'okusanyukirangaku n'ez'okuweerezyaganirangaku emigabo n'ez'okuweererezyangaku abaavu ebirabo.23Awo Abayudaaya ne basuubizya okukolanga nga bwe baatanwire, era nga Moludekaayi bwe yabawandiikiire; 24kubanga Kamani mutabani wa Kamedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya bonabona yabbaire ateeserye eri Abayudaaya okubazikirizya, era yabbaire akubire Puli, niibwo bululu, okubamalawo n'okubazikirizya; 25naye ekigambo bwe kyatuukire mu maiso ga kabaka n'alagiririra mu bbaluwa olukwe lwe olubbiibi lwe yabbaire asaliire Abayudaaya lwire ku mutwe gwe iye; era iye na bataane be bawanikibwe ku kitindiro.26Enaku egyo kyebaviire bajeeta Pulimu ng'eriina lya Puli bwe liri. Awo olw'ebigambo byonabyona eby'omu bbaluwa eno n'olw'ebyo bye baboine mu kigambo ekyo n'ekyo ekyababbaireku, 27Abayudaaya kyebaviire balagira ne basuubizya ne basuubirizya eizaire lyabwe n'abo bonabona abegaitanga nabo, kireke okuwaawo, okukwatanga enaku egyo gyombiri ng'ekiwandiiko kyagyo bwe kyabbaire era ng'ebiseera byagyo bwe byabbaire ebyateekeibwewo buli mwaka; 28era okwijukiranga n'okukwatanga enaku egyo okubuna emirembe gyonagyona, na buli kika, na buli isaza na buli kibuga; era enaku gino egya Pulimu gireke okuwaawo mu Buyudaaya, waire ekijukizo kyagyo kireke okugota eri eizare lyabwe.29Awo Eseza kadulubaale muwala wa Abikayiri no Moludekaayi Omuyudaaya ne bawandiika n'obuyinza bwonabwona okunyweza ebbaluwa eyo ey'okubiri eya Pulimu.30N'aweererya Abayudaaya bonabona ebbaluwa, mu masaza ekikumi mu abiri mu musanvu ag'obwakabaka bwa Akaswero, nga girimu ebigambo eby'emirembe n'amazima,31okunyweza enaku egyo egya Pulimu mu biseera byagyo ebyateekeibwewo, nga Moludekaayi Omuyudaaya no Eseza kadulubaale bwe babalagiire, era nga bwe beeteekeire ibo beene n'eizaire lyabwe mu bigambo eby'okusiiba n'okukunga kwabwe.32Awo ekiragiro kya Eseza ne kinyweza ebigambo ebyo ebya Pulimu; ne kiwandiikibwa mu kitabo.
1Awo ate olunaku lwabbaire lumu abaana ba Katonda ni baiza okukiika mu maiso ga Mukama, n'o Setaani yena n'a izira mu ibo okukiika mu maiso ga Mukama. 2Mukama n'a koba Setaani nti Ova waina? Setaani n'a iramu Mukama n'a tumula nti nva kwiriŋana mu nsi n'o kutambulatambula omwo wano na wadi.3Mukama n'a koba Setaani nti olowoozerye ku mwidu wange Yobu? kubanga wabula mu nsi amufaanana, omusaiza eyatuukiriire era ow'a mazima, atya Katonda ne yeewala obubbiibi: era akaali anywezerye obutayonoona bwe, waire nga wasaakiriirye gy'ali, okumuzikiririrya obwereere.4Setaani n'a iramu Mukama n'a tumula nti oluwu olw'o luwu, niiwo awo, byonabona omuntu by'a lina alibiwaayo olw'o bulamu bwe. 5Naye atyanu golola omukono gwo, okome ku magumba ge n'o ku mubiri gwe, era alikwegaanira mu maiso go. 6Mukama n'a koba Setaani nti bona, ali mu mukono gwo; kyooka mulekere obulamu bwe.7Awo Setaani n'ava awali Mukama, n'a lwalya Yobu amayute amazibu okuva ku bigere bye munda okutuuka ku bwezinge bwe. 8N'a iriranga olugyo okweyagulya; n'a tyamanga mu ikoke.9Awo mukali we n'a mukomba nti okaali onwezerye obutayonoona bwo? weegaane Katonda ofe. 10Yena n'a mukoba nti otumula ng'o mumu ku bakaali abasirusiru bwe batumula. Era! Twaweebwanga bisa mu mukono gwa Katonda ne tutaweebwa bibbiibi? mu ebyo byonabona Yobu tiyayonoonere n'o munwa gye.11Awo mikwanu gya Yobu abasatu bwe bawuliire obubbiibi buno bwonabwona obumwiziiire, ni baiza buli muntu ng'ava mu kifo kye iye; Erifaazi Omutemani, n'o Birudaadi omusuki, n'o Zofali omunaamasi: ne balagaana wamu okwiza okumukungiraku n'okumukubbagizya.12Awo bwe baayimusirye amaiso gaabwe, nga bakaali wala ni batamumanya ne bayimusya eidoboozi lyabwe ni bakunga; ni bakanula buli muntu omunagiro gwe, ni bafuumuulira enfuufu ku mitwe gyabwe eri eigulu. 13Awo ne batyama wamu naye ku itakali ni bamala enaku musanvu emisana n'o bwire, ni watabba amukoba kigambo: kubanga baboine enaku gye nga nyingi inu.
1Awo Yobu n'aleeta ate olugero lwe n'a tumula nti 2Singa mbaire nga bwe nabbaire mu myezi egyabitire, nga bwe nabbaire mu naku Katonda gye yandabirirangamu; 3Etabaaza lye lwe yayakiranga omutwe gwange, n'o musana gwe niigwo gwantambulyanga okubita mu ndikirirya;4Nga bwe nabbaire enaku gyange nga gyengere, ekyama kya Katonda bwe kyabbanga ku weema yange; 5Omuyinza w'e bintu byonabyona bwe yabbaire ng'a kaali nanze, n'a baana bange nga bakaali baneetooloire; 6Ebigere byange bwe byanaabibwanga n'o muzigo, n'olwazi bwe lwanfuukiire emiiga egy'a mafuta!7Bwe nafulumanga ni njaba eri omulyango mu kibuga, bwe nategekanga entebe yange mu luguudo, 8Abaisuka bambonanga n'e begisa, Abakaire ne bayimukanga ni bemerera;9Abakungu n'e balekanga okutumula, ni bateeka omukono gwabwe munwa gwabwe; 10Eidoboozi ery'a bakulu ni lisirika, Olulimi lwabwe ni lwegaita n'e kijigo ky'o munwa gwabwe.11Kubanga ekitu bwe kyampuliranga kaisi ni kineebalya; era eriiso bwe lyambonanga ni libba mujulirizi wange: 12Kubanga nawonyanga omwavu eyakungire, era n'abula itaaye eyabulirwe ow'o kumuyamba. 13Omukisa gwangiziire oyo gwe yansabiire eyabbaire ataka okuzikirira: Ne nyembesya olw'e isanyu omwoyo gwa namwandu.14Navaala obutuukirivu ni bumbikaku: Obutalya nsonga bwange ne bubba ng'o munagiro n'e ngule. 15Nabbanga amaiso eri omuwofu, Era nabbanga ebigere eri awenyera. 16Nabbanga itawabwe abeetaaga: Era nakeberanga ensonga y'oyo gwe ntamaite.17Era namenyanga atali mutuukirivu olusaya, ni nsika omuyiigo ni ngutoola mu mainu ge, 18Kale ni ntumula nti ndifiira mu kisu kyange, Era natumulanga enaku jange ng'o musenyu: 19Emizi gyange girandire eri amaizi, n'omusulo gubba ku itabi lyange ni gukyeesya obwire:20Ekitiibwa kyange kiiza gye ndi, n'o mutego gwange gwiriibwe buyaka mu mukono gwange. 21Nze abantu bampulisisyanga ni balinda, Ne basirikira okuteesya kwange. 22Nga ndetere ebigambo ibo ni batatumula ate; okutumula kwange ne kubagwaku.23Era banindiriire nga bwe balindirira amaizi; Era baasamire inu omunwa gwabwe ng'abaasamiire amaizi ag'omutoigo. 24Bwe nabasekeranga ne bataikirirya; n'o musana gw'a maiso gange tebaaguswire.25Neerobozyanga engira yabwe ne ntyama ng'o mukulu, Ne mba nga kabaka mu igye, ng'o muntu akubbagizya abakungubaga.
1Mukama, kubanga awuliire Eidoboozi lyange n'okwegayirira kwange. 2Kubanga antegeire ekitu, Kyenaavanga mukoowoola nga nkaali mulamu.3Emiguwa egy'okufa gyansibire. N'okulumwa kw'emagombe kwankwaite: Ne mbona enaku n'okutegana. 4Kaisi ne nkoowoola eriina lya Mukama; Nti Ai Mukama, nkwegayiriire, omponye emeeme yange.5Mukama we kisa, era mutuukirivu; Niiwo awo, Katonda waisu alina okusaasira. 6Mukama akuuma abo ababula nkwe: Najeezeibwe, n'andokola.7Nairire mu kiwumulo kyo, iwe emeeme yange; Kubanga Mukama akukoleire eby'ekisa ekingi. 8Kubanga omponyerye emeeme yange okufa, Amaiso gange obutakunga maliga, N'ebigere byange obutagwa.9Naatambuliranga mu maiso ga Mukama Mu nsi y'abalamu. 10Njikiriirye, kubanga nditumula: Nabonyaabonyezeibwe inu: 11Ne ntumula nga nyanguwa Nti Abantu bonabona bubbeyi.12Kiki kye ndisasula Mukama Olw'ebisa bye byonabyona eri nze? 13Nditoola akakompe ak'obulokozi, Era ndikungira eriina lya Mukama. 14Ndisasula obweyamu bwange eri Mukama, Niiwo awo, mu maiso g'abantu be bonabona. 15Okufa kw'abatukuvu be Kwo muwendo mungi mu maiso ga Mukama.16Ai Mukama, mazima nze ndi mwidu wo: Nze ndi mwidu wo, era omwana w'omuzaana wo; Osumulwire ebyansibire. 17Ndikuwa sadaaka ey'okwebalya, Era ndikungira eriina lya Mukama.18Ndisasula obweyamu bwange eri Mukama, Niiwo awo, mu maiso g'abantu be bonabona; 19Mu mpya gy'enyumba ya Mukama, Wakati mu iwe, iwe Yerusaalemi. Mumutendereze Mukama.
1Mumutendereze Mukama, imwe amawanga gonagona; Mumugulumizye, imwe abantu bonna. 2Kubanga okusaasira kwe kungi eri ife: N'amazima ga Mukama gabbeerera emirembe gyonagyona, Mumutendereze Mukama.
1Natumula mu mwoyo gwange nti Kale, nakukema n'ebinyumu; kale bba n'eisanyu: era, bona, n'ekyo nga niibwo butaliimu. 2Natumwire ku nseko nti Giralukire: no ku binyumu nti Bikola ki?3Nasagiire mu mwoyo gwange bwe mba nsanyusya omubiri gwange n'omwenge, omwoyo gwange nga gukaali gunuŋamya n'amagezi, era bwe mba nywezya obusirusiru, ntegeere ebisaanira abaana b'abantu okukola wansi w'eigulu enaku gyonagyona egy'obulamu bwabwe.4Neekolera emirimu eminene, neezimbira enyumba; neesimbira ensuku egy'emizabbibu; 5neekolera ensuku n'enimiro, ne nsimba omwo emiti egy'ebibala eby'engeri gyonagyona: 6neesimira ebidiba eby'amaizi, okugafukirirya ekibira emisaale mwe gyasimbiibwe:7nagula abaidu n'abazaana, ne nzaalirwa abaidu mu nyunba yange: era nabbaire n:obugaiga bungi obw'ente n'embuli, okusinga abo bonabona abansookere mu Yerusaalemi: 8era neekuŋaanyirya feeza ne zaabu, n'obugaiga obw'omu buli nsi obwa bakabaka n'obw'omu masaza: neefunira Abasaiza abembi n'abakali abembi, n'ebisanyusa abaana b'abantu, abazaana bangi inu.9Kale ne mba mukulu, ne neeyongera okusinga bonabona abansookere mu Yerusaalemi: era amagezi gange ne gabba nanze. 10Na buli kintu amaiso gange kye geegombanga tinakikobere: tinaziyizire mwoyo gwange obutabona isanyu lyonalyona, kubanga omwoyo gwange gwasanyukire olw'emirimu gyange gyonagyona; era guno niigwo gwabbaire omugabo gwange ogwaviire mu mirimu gyange gyonagyona.11Awo Kaisi ne ningirira emirimu gyonagyona emikono gyange gye gyabbaire gikolere n'okutegana kwe nateganire okukola: era, bona, byonbyona butaliimu na kusengererya mpewo, so nga wabula kintu kigasa wansi w'eisana. 12Awo ne nkyuka okubona amagezi n'eiralu n'obusirusiru: kubanga omuntu asobola ki airirira kabaka? Asobola ekyo ekyakoleibwe eira.13Awo ne mbona ng'amagezi gasinga obusirusiru obusa ng'omusana bwe gusinga endikirirya. 14Omugezigezi amaiso ge gabba mu mutwe gwe, n'omusirusiru atambulira mu ndikirirya: era naye ne ntegeera nga bonabona ekigambo kimu kibatuukaku.15Awo ne nkoba mu mwoyo gwange nti Ekituuka ku musirusiru era niikyo kirituuka ku nze nzeena; kale musinga mu ki amagezi? Kale ne ntumula mu mwoyo gwange nga n'ekyo butaliimu. 16Kubanga n'omugezigezi era nga n'omusirusiru taijukirwa mirembe gyonagyona; kubanga mu biseera ebigenda okwiza byonbyona nga byamalire ira okwerabirwa. Era omugezigezi ng'afa okwekankana n'omusirusiru!17Awo ne nkyawa obulamu; kubanga emirimu egikolebwa wansi w'eisana gyantamire: kubanga byonbyona butaliimu na kusengererya mpewo. 18Awo ne nkyawa okutegana kwange kwonakwona kwe nateganire wansi w'eisana: kubanga kiŋwanira okukulekera omusaiza alingiririra.19Era yani amaite oba ng'alibba mugezigezi oba musirusiru, naye alifuga okutegana kwange kwonakwona kwe nateganire, era kwe nayoleseryemu amagezi wansi w'eisana. Era n'ekyo butaliimu. 20Kyebaviire nkyuka omwoyo gwange ne guwaamu eisuubi ery'okutegana kwonakwona kwe nateganire wansi w'eisana.21Kubanga wabbairewo omuntu okutegana kwe kulina amagezi n'okumanya n'obukabakaba; naye omuntu atategananga mu ibyo gw'alikulekera okubba omugabo gwe. Era n'ekyo butaliimu na kabbiibi kanene. 22Kubanga omuntu afuna ki olw'okutegana kwe kwonakwona n'olw'okufuba kw'omwoyo gwe kw'ategana wansi w'eisana? 23Kubanga enaku gye gyonagyona bwinike bwereere, n'okufuba kwe kunakuwala; niiwo awo, no mu bwire omwoyo gwe tegubbaaku bwe guwumula. Era n'ekyo butaliimu.24Wabula kintu ekigasa omuntu okusinga okulya n'okunywa n'okuliisya emeeme ye ebisa mu kutegana kwe. Era n'ekyo nakiboine nga kiva eri omukono gwa Katonda. 25Kubanga yani asobola okulya, oba yani asobola okubba n'eisanyu okusinga nze?26Kubanga omuntu amusanyusa Katonda gw'awa amagezi n'okumanya n'eisanyu: naye alina ebibbiibi amuwa okutegana, akuŋaanye atuume entuumu, awe oyo asanyusa Katonda. Era n'ekyo butaliimu na kusengererya mpewo.
1Buli kintu kiriku entuuko yaakyo, na buli kigambo ekiri wansi w'eigulu kiriku ekiseera kyakyo: 2ekiseera eky'okuzaaliwamu, n'ekiseera eky'okufiiramu; ekiseera eky'okusimbiramu, n'ekiseera eky'okusimbuliramu ekyo ekyasiimbibwe; 3ekiseera eky'okwitiramu, n'ekiseera eky'okuwonyeryamu; ekiseera eky'okwabiryamu, n'ekiseera eky'okuzimbiramu;4ekiseera eky'okukungiramu amaliga, n'ekiseera eky'okusekeramu; ekiseera eky'okuwuubaaliramu, n'ekiseera eky'okuziniramu; 5ekiseera eky'okusuuliramu amabbaale, n'ekiseera eky'okukugnaanyiryamu amabbaale; ekiseera eky'okugwiramu mu kifubba, n'ekiseera eky'obutagwiramu mu kifubba;6ekiseera eky'okusagiriramu, n'ekiseera eky'okubulirirwamu; ekiseera eky'okukuumiramu, n'ekiseera eky'okusuuliramu; 7ekiseera eky'okukanuliramu, n'ekiseera eky'okutungiramu; ekiseera eky'okusirikiramu, n'ekiseera eky'okutumuliramu;8ekiseera eky'okutakiramu, n'ekiseera eky'okukyawiramu; ekiseera eky'okulwaniramu, n'ekiseera eky'okutabaganiramu. 9Magoba ki gaafuna oyo akola emirimu mu ekyo mw'ateganira? 10Nabona okutegana Katonda kwe yawaire abaana b'abantu okubateganya.11Yafwire buli kintu okubba ekisa mu kiseera kyakyo: era yateekere ensi mu mumwoyo gwabwe, naye agiteekamu atyo omuntu n'okusobola n'atasobola kukebera mulimu Katonda gwe yakolere okuva ku luberyeberye okutuuka ku nkomerero.12Maite nga wabula kintu kibagasa okusinga okusanyuka n'okukola okusa enaku gy'onagyona nga bakaali balamu. 13Era buli muntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebisa mu kutegana kwe kwonakwona, niikyo ekirabo kya Katonda.14Maite nga buli Katonda ky'akola kyabbanga kyo lubeerera; wabula kintu kisoboka okukyongerwaku, waire okukisalibwaku: era Katonda kyewaviire akikola abantu kaisi batye mu maiso ge. 15Ekiriwo kyamalire ira okubbaawo; n'ekyo ekyaba okubbaawo kyabbairewo ira; era Katonda asagira ate ekyo ekyabitirewo16Era ate naboine wansi w'eisana mu kifo eky'okusaliramu emisango ng'obubbiibi bwabaire eyo; no mu kifo eky'obutuukirivu ng'obubbiibi bwabaire omwo. 17Ne njogera mu mwoyo gwange nti Katonda niiye alisala emisango gy'omutuukirivu n'omubbiibi: kubanga eyo eriyo ekiseera eky'ekigambo kyonakyona n'omulimu gwonagwona.18Ne ntumula mu mwoyo gwange nti Kibba kityo olw'abaana b'abantu Katonda kaisi abakeme, babone nga ibo beene bali ng'ensolo obusolo.19Kubanga ekyo ekituuka ku baana b'abantu niikyo ekituuka ku nsolo; ekigambo kimu kibatuukaku; ng'ekyo kufa, n'oyo bw'afa atyo; niiwo awo, bonabona balina omwoka gumu; so abantu babulaku bwe basinga nsolo: kubanga byonabyona butaliimu. 20Bonabona baaba mu kifo kimu; bonabona baava mu nfuufu, era bonabona baaba mu nfuufu ate.21Yani amaite omwoyo gw'abantu oba nga guniina mu igulu, n'omwoyo gw'ensolo oba gwika wansi mu itakali? 22Kyenaviire mbona nga wabula kintu kisinga kino obusa, omuntu okusanyukiranga emirimu gye; kubanga ogwo niigwo mugabo gwe: kubanga yani alimwirya okubona ebyabbangawo oluvannyuma lwe?
1Awo ne ngirayo ne mbona okujooga kwonakwona kwe bajooga wansi w'eisana: era, bona, amaliga g'abo abajoogebwa, so nga babula abasanyusya; n'obuyinza nga buli ku luuyi lw'abajoogi baabwe, naye nga babula abasanyusya.2Kyenaviire ntendereza abafu abaamalire okufa okusinga abalamu abakaali babona; 3niiwo awo, ne ndowooza okusinga bombiri oyo akaali okubbaawo, atabonanga mulimu mubbiibi ogukolebwa wansi w'eisana.4Awo ne mbona okutegana kwonakwona na buli mulimu ogw'amagezi, ng'olwekyo omuntu kyava amukwatirwa omwinaye eyiyali. Era n'ekyo butaliimu na kusengererya mpewo.5Omusirusiru afunya emikono gye, n'alya omubiri gwe iye. 6Olubatu lumu wamu n'okutereera lusinga embatu eibiri wamu n'okutegana n'okusengererya empewo.7Awo ne ngirayo ne mbona obutaliimu wansi w'eisana. 8Wabbaawo ali omumu, nga abula wo kubiri; niiwo awo, abula omwana waire ow'oluganda: naye okutegana kwe kwonakwona kubulaku we kukoma, so n'amaiso ge tegaikuta bugaiga. Kale nteganira yani, bw'atumula, ne nyima emeeme yange ebisa? Era n'ekyo butaliimu, niiwo awo, kweraliikirira kungi.9Babiri basinga omimu; kubanga babba n'empeera ensa olw'okutegana kwabwe. 10Kubanga bwe bagwa omumu aliyimusya mwinaye: naye gimusangire oyo ali yenka bw'agwa, so nga abula mwimaye amuyimusya. 11Ate babiri bwe bagalamirira awamu, lwe babuguma: naye omumu asobola atya okubuguma bw'abba yenka?12Era omuntu bw'asinga oyo ali yenka, ababiri niibo balimusobola; n'omuguwa ogw'emiyondo eisatu tegutera kukutuka.13Omulenzi omwavu omugezigezi asinga kabaka omukaire omusirusiru atakaali amaite kubuulirirwa. 14Kubanga mu ikomera niimwo yaviire okubba kabaka; niiwo awo, no mu bwakabaka bwe yazaaliibwe nga mwavu.15Naboine abalamu bonabona abatambulira wansi w'eisana, nga baali wamu n'omulenzi, ow'okubiri, eyayemereire mu kifo kye. 16Abantu bonabona babulalaku gye bakoma, abo bonabona niibo beyakuliire: naye abo abalibbaawo oluvannyuma lwe tebalimusanyukira. Mazima era n'ekyo butaliimu na kusengererya mpewo.
1Okuumanga ekigere kyo bw'oyabanga mu nyumba ya Katonda; kubanga okusembera okuwulira kusinga okuwaayo Sadaaka ey'abasirusiru: kubanga tebamaite nga bakola kubbiibi.2Omunwa gwo tegwanguyirizyanga, so n'omwoyo gwo guleke okwanguyirizyanga okutumula ekigambo kyonakyona mu maiso ga Katonda; kubanga Katonda ali mu igulu, naiwe oli ku nsi: kale ebigambo byo bibbenga bitono. 3Kubanga ekirooto kiizira wamu n'obungi bw'emirimu; n'eidoboozi ly'omusirusiru liizira wamu n'obungi bw'ebigambo.4Bweweyamanga obweyamu eri Katonda, tolwangawo okubusasula; kubanga tasanyukira basirusiru: osasulanga ekyo kye weeyamire. 5Waakiri oleke okweyama, okusinga okweyama n'oleka okusasula.6Toganyanga munwa gwo okwonoonesya omubiri gwo; so totumulanga mu maiso ga malayika nga kwabbaire kusobya: Katonda kiki ekyabba kimusunguwalirya eidoboozi lyo, n'azikirizya omulimu ogw'emikono gyo? 7Kubanga bwe kituukirira kityo olw'obungi lw'ebirooto n'obutaliimu n'ebigambo ebingi: naye iwe otyanga Katonda.8Bwewabonanga abaavu nga babajooga, era nga balya ensonga olw'amaani ne banyoola omusango mu isaza, teweewuunyanga kigambo ekyo: kubanga asinga abagulumivu obugulumivu ateekayo omwoyo; era waliwo abasinga ibo obugulumivu. 9Ate ekyengera eky'eitakali kibba kya bonabona: kabaka mwene enimiro emuweereza.10Ataka feeza taikutenga feeza; so n'oyo Ataka obusa, ekyengera tekyamwikutyenga: era n'ekyo butaliimu. 11Ebintu bwe byeyongera, n'abo ababirya ne beeyongera: kale magoba ki mwene wabyo g'afuna, wabula okubibona obuboni n'amaiso ge?12Endoolo gy'omukozi w'emirimu gimuwoomera, oba nga alya bitono oba nga bingi: naye omwikuto ogw'omugaiga tegumumwikirirya kugona.13Waliwo ekibbiibi ekinene kye naboine wansi w'eigulu, niikyo kino, obugaiga mwene wabwo bw'akuuma ne yeerumya yenka: 14obugaiga obwo ne buzikirira olw'ebigambo ebibbiibi ebiwaawo; era bw'abba ng'azaire omwana, nga mubula kintu mu mukono gwe.15Nga bwe yaviire mu kida kya maye, ng'ali bwereere, atyo bw'aliirayo, nga bwe yaizire, so talitwala kintu olw'okutegana kwe, ky'asobola okutwala mu mukono gwe. 16Era n'ekyo kibibiibi kinene, ng'alyaba ng'ali atyo mu bigambo byonbyona era; nga bwe yaizire: era magoba ki g'alina n'okutegana n'ateganira mpewo? 17Era enaku gye gyonagyona aliira mu ndikirirya, era yeeraliikirira inu, era abaaku endwaire n'obusungu.18Bona, ekyo kye naboine nga niikyo ekiwooma niikyo ekisaana niikyo kino, omuntu okulyanga n'okunywanga n'okusanyukiranga ebisa mu kutegana kwe kwonakwona kw'ategana wansi w'eisana enaku gyonagyona egy'obulamu bwe Katonda bwe yamuwaire: kubanga ogwo niigwo mugabo gwe.19Era buli muntu Katonda gw'awaire obugaiga n'ebintu, era ng'amuwaire obuyinza okulyangaku n'okukwatanga omugabo gwe n'okusanyukiranga okutegana kwe; ekyo niikyo kirabo kya Katonda. 20Kubanga taliijukira einu enaku egy'obulamu bwe; kubanga Katonda amwiramu olw'okusanyuka kw'omwoyo gwe.
1Waliwo ekibbiibi kye naboine wansi w'eisana, era kizitoowerera abantu: 2omuntu Katonda gw'awa obugaiga n'ebintu n'ekitiibwa, n'okubulwa n'atabulwa kintu olw'emeeme ye ku ebyo byonabyona bye yeegomba, naye Katonda n'atamuwa buyinza kubiryaku, naye omugeni niiye abirya; ekyo butaliimu, era niiyo ndwaire embiibbi.3Omuntu bw'azaala abaana kikumi, n'awangaala emyaka mingi, enaku egy'emyaka gye ne gibba mingi, naye emeeme ye n'eteikuta bisa, era ate n'aboine no kuziikibwa; ntumula ng'omwana wanenge amusinga oyo: 4kubanga aizira mu butaliimu n'ayabira mu ndikirirya, n'eriina lye libiikibwaku endikirirya;5ate tabonanga isana so talimanyanga; ono niiye abba n'okuwummula okusinga oyo: 6niiwo awo, waire ng'awangaala emyaka lukumi emirundi ibiri, naye n'atasanyukira bisa: bonabona tebaire mu kifo kimu?7Okutegana kwonakwona okw'omuntu kubba kwa munwa gwe, era naye okwegomba tekwikuta. 8Kubanga omugezigezi asinga atya omusirusiru? oba omwavu alina ki, amaite okutambulira mu maiso g'abalamu?9Okubona n'amaiso niikwo kusinga okutambulatambula n'omwoyo ogwegomba: era n’ekyo butaliimu na kusengererya mpewo. 10Buli ekyabbairewo, eriina lyakyo lyatuumiibwe ira, era kimanyiibwe nga muntu: so tasobola kuwakanya oyo amusinga amaani.11Kubanga waliwo ebintu bingi ebyongera ku butaliimu, omuntu yeeyongera ki okugasa? 12Kubanga yani amaite ekisaanira omuntu mu bulamu bwe, enaku gyonagyona egy'obulamu bwe obutaliimu bw'amalawo ng'ekiwolyo? kubanga yani asobola okubuulira omuntu ebyabbanga oluvanyuma lwe wansi w'eisana?
1Eriina eisa lisinga amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi; n'olunaku olw'okufiiramu lusinga olunaku olw'okuzalirwamu. 2Okwaba mu nyumba ey'okuwuubaaliramu, kusinga okwaba mu nyumba ey'okuliiramu embaga: kubanga eyo niiyo enkomerero y'abantu bonabona; n'omulamu alikiteeka ku mwoyo gwe.3Enaku gisinga enseko: kubanga obwinike bw'amaiso niibwo busanyusa omwoyo. 4Omwoyo gw'abagezigezi gubba mu nyunba ey'okuwuubaaliramu; naye omwoyo gw'abasirusiru gubba mu nyumba ey'ebinyumu.5Okuwulira okunenya kw'omugezigezi kusinga okuwulira olwembo olw'abasirusiru. 6Kubanga amawa nga bwe gatulikira wansi w'entamu, enseko gy'omusirusiru gibba gityo: era n'egyo butaliimu7Mazima obukamuli bufuula omugezigezi okubba omusirusiru; era enguzi emalamu okutegeera.8Enkomerero y'ekigambo esinga obusa okusooka kwakyo: alina omwoyo ogugumiinkiriza asinga alina omwoyo ogw'amalala. 9Toyanguwiriryanga mu mwoyo gwo okusunguwala: kubanga obusungu bubba mu kifubba ky'abasirusiru.10Totumulanga nti Nsonga ki enaku egy'eira kyegyavanga gisinga gino? kubanga tobuulya kino lwa magezi.11Amagezi gekankana obusa obusika: niiwo awo, gasinga okuwooma eri abo ababona eisana. 12Kubanga amagezi kigo, nga feeza bw'eri ekigo: naye okumanya kyekuva kusinga obusa, kubanga amagezi gakuuma obulamu bwo mwene wago.13Lowooza omulimu gwa Katonda: kubanga yani asobola okuluŋamya ekyo iye kye yanyoire?14Osanyukiranga ku lunaku olw'okuboneramu omukisa, era olowoozeryanga ku lunaku olw'okuboneramu enaku: Katonda yalirainye olwo ku mbali g'olwo, omuntu alekenga okubona ekintu kyonakyona ekiribba oluvanyuma lwe.15Ebyo byonabyona nabiboneire mu naku egy'obutaliimu bwange: waliwo omuntu omutuukirivu azikirira mu butuukirivu bwe, era waliwo omuntu omubbiibi awangaalira mu kukola obubbiibi bwe. 16Tosukiriranga kubba mutuukirivu; so teweefuulanga asukiriiza amagezi: lwaki iwe okwezikirizya?17Tosukiriranga kubba mubbiibi, so tobbanga musirusiru: lwaki iwe okufa ekiseera kyo nga kikaali kutuuka? 18Kisa okwatenga ekyo; niiwo awo, na kidi tokitoolaku mukono gwo: kubanga atya Katonda yavanga mu byonabyona.19Amagezi maani eri omugezigezi okusinga abafuga eikumi abali mu kibuga. 20Mazima wabula muntu mutuukirivu ku nsi akola ebisa n'atayonoona.21Era toteekayo mwoyo eri ebigambo byonabyona ebitumulwa; olekenga okuwulira omwidu wo ng'akukolimira: 22kubanga emirundi mingi omwoyo gwe gwona gumaite nga weena otyo wakolimiire abandi.23Ebyo byonabyona nabikemere lwa magezi: natumula nti Ndibba mugezigezi; naye ne gabba wala. 24Ekiriwo kiri wala era kyaba wansi inu; yani asobola okukikebeera? 25Nakyukire, omwoyo gwange ne ngukakasya okumanyanga n'okukeneenyanga, n'okusagiranga amagezi n'ensonga gy'ebigambo n'okumanyanga ng'obubbiibi busirusiru, era ng'obusirusiru iralu:26era mbona ekigambo ekisinga okufa okubalagala, niiye mukali, omwoyo gwe byambika n'ebitimba; n'emikono gye giri ng'enjegere: buli asanyusya Katonda alimuwona; naye alina ebibbiibi alikwatibwa iye.27Bona, kino kye naboine, bw'atumula Omubuulizi, nga nteeka ekigambo ekindi ku kindi okusagira ensonga: 28emeeme yange ky'ekyasagiire, naye nkaali kukibona: omusaiza omumu mu lukumi gwe naboine; naye omukali mu abo Bonabona gwe ntabonanga.29Bona, kino kyonka kye naboine nga Katonda yakolere abantu nga bagolokofu; naye ibo ne banoonia bingi bye baagunja.
1Yani ali ng'omugezigezi? era yani amaite ekigambo bwe kitegeezebwa? Amagezi g'omuntu ganyirirya amaiso ge, n'obukakanyavu bw'amaaso ge ne buwaanyisibwa.2Nkulambira ebigambo, nti Okwatanga ekiragiro kya kabaka, era kyova okola otyo olw'ekirayiro kya Katonda: 3Toyanguyiriryanga kuva w'ali; tolemeranga mu kigambo ekibbiibi: kubanga akola buli ky'ataka. 4Kubanga ekigambo kya kabaka kirina obuyinza; era yani asobola okumukoba nti Okola ki?5Buli akwata ekiragiro talibbaaku kigambo kibibiibi ky'alimanya; n'omwoyo gw'Omuntu omugezigezi gwawula ekiseera n'okuteesya: 6kubanga buli kigambo ky'otaka okukola kibbaaku ekiseera kyakyo n'okuteesa kwakyo; kubanga obwiinike bw'omuntu bumuzitoowerera inu: 7kubanga tamaite ekiribbaawo: kubanga yani asobola okumukobera bwe kiribba?8wabula muntu alina obuyinza ku mwoyo okuziyizya omwoyo; so abula buyinza ku lunaku olw'okufiiramu; so mu ntalo egyo mubula kusindikibwa: so n'obubbiibi tebulimuwonya oyo abusengererya. 9Ebyo byonabyona nabiboine, ne nteekayo omwoyo gwange eri buli mulimu ogukolebwa wansi w'eisana: wabaawo ekiseera omuntu omumu bw'abba n'obuyinza ku gondi olw'okumukola obubbiibi.10Era ate naboine ababbiibi nga babaziika, ne baiza eri entaana; n'abo abaakolanga eby'ensonga ne baaba nga bava mu kifo ekitukuvu, ne beerabirwa mu kibuga: era n'ekyo butaliimu. 11Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibbiibi tebagutuukirirya mangu, omwoyo gw'abaana b'abantu kyeguva gukakasibwa dala mu ibo okukola obubbiibi.12Alina Ebibbiibi newakubadde ng'akola obubbiibi emirundi ikumi n'awangaala inu, era naye mazima maite ng'abo abatya Katonda babbanga kusa, abatya mu maiso ge: 13naye omubbiibi taabbenga kusa, so taliwangaala naku nyingi egiri ng'ekiwolyo; kubanga tatya mu maiso ga Katonda.14Waliwo obutaliimu obukolebwa ku nsi; nga waliwo abantu abatuukirivu abagwibwaku ebiriŋanga omulimu ogw'ababbiibi; naye waliwo abantu ababbiibi abagwibwaku ebiriŋanga omulimu ogw'abatuukirivu: ne ntumula nga n'ekyo butaliimu. 15Awo ne nsiima ebinyumu, kubanga omuntu abula kintu kyonakyona ekisinga obusa wansi w'eisana wabula okulyanga n'okunywanga n'okusanyukanga: kubanga ebyo byabbanga naye mu kutegana kwe enaku gy'onagyona egy'obulamu bwe Katonda bw'amuwaire wansi w'eusana.16Bwe nateekereyo omwoyo gwange okumanya amagezi, n'okubona emirimu egikolebwa ku nsi: (kubanga waliwo era atafuna ndoolo mu maiso ge emisana n'obwire:) 17awo ne nbona omulimu gwonagwona ogwa Katonda; omuntu nga tasoboka kukebera mulimu ogukolebwa wansi w'eisana: kubanga omuntu no bw'ategana atya okugukebera, naye taligubona; niiwo awo, ate omugezigezi no bw'alowooza okugumanya, ate talisobola kugubona.
1Kubanga ebyo byonabyona nabiteekere ku mwoyo gwange, okukeeta ebyo byonabyona; ng'abatuukirivu n'abagezigezi n'emirimu gyabwe babbaire mu mukono gwa Katonda: oba nga kutaka oba nga kukyawa omuntu takumaite: byonabyona biri mu mberi yaabwe.2Byonabyona byekankana okwizira bonabona: waliwo ekigambo ekimu eri omutuukirivu n'omubbiibi; eri omusa n'eri omulongoofu n'eri atali mulongoofu; eri oyo asala sadaaka n'eri oyo atasala sadaaka: ng'omusa bw'ali, alina ebibbiibi bw'ali atyo; n'oyo alayira ali ng'oyo atya ekirayiro.3Ekyo kibbiibi mu byonabyona ebikolebwa wansi w'eisana, ng'ekigambo ekimu ekibaizira bonabona: niiwo awo, era omwoyo gw'abaana b'abantu gwizwire obubbiibi, era eiralu liri mu mwoyo gwabwe nga bakaali balamu, awo oluvanyuma, lw'ekyo ne baira mu bafu.4Kubanga eri oyo agaitibwa n'abalamu bonabona waliwo eisuubi: kubanga embwa enamu esinga empologoma enfu obusa. 5Kubanga abalamu bamaite nga balifa: naye abafu babulaku kye bamaite, so nga tebakaali balina empeera; kubanga ekijukiryo kyabwe kyerabirwa.6Okutaka kwabwe kwekankana n'okukyawa n'eiyali lyabwe okuzikirira atyanu: so nga tebakaali balina mugabo enaku gyonagyona mu byonabyona ebikolebwa wansi w'eisana. 7Weyabiranga, olyenga emere yo ng'osanyuka, onywenga omwenge gwo n'omwoyo ogujaguzya; kubanga Katonda amalire okwikirirya emirimu gyo. 8Ebivaalo byo bitukulenga enaaku gyonagyona; so n'omutwe gwo tegubulwanga mafuta.9Bbanga n'omukali gw'otaka n'eisanyu enaku gyonagyona egy'obulamu bwo obutaliimu bw'akuwaire wansi w'eisana, enaku gyo gyonagyona egitaliimu: kubanga ogwo niigwo mugabo gwo mu bulamu, no mu kutegana kwo kw'otegana wansi w'eisana. 10Buli kintu omukono gwo kye gubona okukola, okikolenga n'amaani go; kubanga wabula mulimu waire okuteesya waire okumanya waire amagezi mu magombe gy'oyaba.11Awo ne ngirayo ne mbona wansi w'eisana ng'ab'embiro ti niibo basinga empaka egy'embiro, so n'ab'amaani ti niibo basinga okulwana, so n'abagezigezi ti niibo bafuna emere, so n'abantu abategeevu ti niibo bafuna obugaiga, so n'abakabakaba ti niibo baganja; naye bonabona bibagwira bugwiri ebiseera n'ebigambo. 12Kubanga n'omuntu tamaite kiseera kye: ng'ebyenyanza ebikwatibwa mu butiimba obubbiibi, era ng'enyonyi egikwatibwa mu kakunizo, era batyo abaana b'abantu bateegebwa mu kiseera ekibbiibi, bwe kibagwira nga tebamanyiriire.13Era naboine amagezi wansi w'eisana ntyo; ne gafaanana mangi gye ndi: 14waaliwo ekibuga ekitono n'abasaiza ababbaire omwo ti bangi; kabaka omukulu n'akirumba, n'akizingizya, n'akizimbaku amakomera amanene: 15awo ne waboneka omwo omusaiza omwavu omugezigezi, oyo n'awonya ekibuga olw'amagezi ge; era naye ne watabba muntu aijukira omusaiza oyo omwavu.16Kale ne ntumula nti Amagezi gasinga amaani obusa: era naye amagezi g'omwavu ganyoomebwa, ebigambo bye ne batabiwulira.17Ebigambo eby'abagezigezi ebitumulwa akasirise babiwulira okusinga okuwowogana kw'oyo afugira mu basirusiru. 18Amagezi gasinga ebyokulwanisya: naye omumu alina ebibbiibi azikirizya ebisa bingi.
1Ensowera enfu giwunyisya ekivundu amafuta ag'omusita ag'omufumbi wa kalifuwa: kityo obusirusiru obutono bumalawo amagezi n'ekitiibwa. 2Omwoyo gw'omugezigezi gubba ku mukono gwe omulyo; naye omwoyo gw'omusirusiru gubba ku mukono gwe omugooda. 3Era, niiwo awo, omusirusiru bw'abba nga atambulira mu ngira, okutegeera kwe ne kumuaku, n'akoba buli muntu nga musirusiru.4Omwoyo gw'omukulu bwe gukugolokokeraku, tovanga mu kifo kyo; kubanga okwemenya kwikaikanya okunyiiga okungi.5Waliwo ekibbiibi kye naboine wansi w'eisana, ekiri ng'okusobya okuva eri omukulu: 6obusirusiru aga butyamisibwa awali ekitiibwa ekinene, abagaiga ne batyama mu kifo ekya wansi 7Naboine abaidu nga beebagaire embalaasi, n'abalangira nga batambula ng'abaidu ku itakali.8Asima obwina aiibugwamu; era awagula olukomera, omusota gulimuluma. 9Buli asima amabbaale galimuluma; n'oyo ayasya enku gimuleetera akabbiibi.10Ekyoma bwe kikoŋontera, n'oleka okuwagala omunwa gwakyo, kale kikugwanira okweyongera okuteekaaku amaani: naye amagezi gagasa okuluŋamya. 11Omusota bwe guluma nga gukaali kulogebwa, kale omulogo abulaku ky'agasa.12Ebigambo eby'omunwa gw'omugezigezi bye kisa; naye omunmwa gy'omusirusiru girimira niiye mweene13Okusooka kw'ebigambo eby'omu munwa niibwo busirusiru: n'enkomerero y'okutumula kwe iralu erireeta akabbiibi. 14Era omusirusiru ayongerayongera ebigambo: naye omuntu tamaite ebiribaawo; n'ebiribbaawo oluvanyuma lwe yani asobola okumubuulira?15Okutegana kw'abasirusiru kubakooyesya bonabona mumu ku mumu, kubanga tamaite w'abba abita okwaba mu kibuga.16Gikusangire, iwe ensi, kabaka wo bw'abba nga niiye omwana mutomuto, abakulu ibo ne balya amakeeri! 17Olina omukisa, iwe ensi, kabaka wo bw'aba nga niiye omwana w'abakungu, abakulu ibo baliira, mu ntuuko olw'okufuna amaani so ti lwo kutamiira!18Olw'obugayaavu akasolya kabotoka; era olw'okugayaala kw'emikono enyumba etonnya. 19Embaga bagifumbira kuleeta nseko, n'omwenge gusanyusa obulamu: ne feeza eyanukulira byonabyona.20Tokolimiranga kabaka, waire mu kulowooza kwo; so tokolimiranga mugaiga mu nyumba yo mw'ogona: kubanga enyonyi ey'omu ibbanga eritwala eidoboozi, n'ekirina ebiwawa kiribuulira ekigambo ekyo.
1Suulanga emere yo ku maizi: kubanga olibona enaku nyingi nga gibitirewo. 2Owenga musanvu omugabo, niiwo awo, munaana; kubanga tomaite ekibbiibi bwe kiribba ku nsi. 3Ebireri bwe biizula amaizi, ne bifukuka ku nsi: n'omusaale bwe gugwa okwolekera obukiika obwa obulyo oba obugooda, mu kifo omusaale mwe gugwa niiwo wegulibba.4Alabirira embuyaga talisiga; n'oyo alingirira Ebireri talikungula. 5Nga bw’otomaite engira ey'empewo bweri, waire amagumba bwe gakulira mu kida lw'oyo ali ekida; era otyo bw'otomaite mulimu gwa Katonda akola byonabyona.6Amakeeri osiganga ensigo gyo, n'eigulo toiririryanga mukono gwo: kubanga tomaite bwe giri ku egyo egiribona omukisa, oba giino oba egyo, oba gyonagyona giryekankana okubba ensa. 7Mazima omusana guwooma, era kigambo kye eisanyu amaiso okubona eisana. 8Niiwo awo, omuntu bw'awangaala emyaka emingi, agisanyukirenga gyonagyona; naye aijukirenga enaku egy'endikirirya, kubanga giribba nyingi. Byonabyona ebiiza butaliimu.9Sanyukiranga obuvubuka bwo, iwe omulenzi; omwoyo gwo gukusanyusyenga mu naku egy'obuvubuka bwo, otambulirenga mu mangira ag'omwoyo gwo no mu kubona kw'amaiso go: naye tegeera nga Katonda alikusalira omusango gw'ebyo byonabyona. 10Kale toolangawo obwinike ku mwoyo gwo, otoolengawo obubbiibi ku mubiri gwo: kubanga obutobuto n'obuvubuka butaliimu.
1Era oijuukiriranga Omutonzi wo mu biseera eby'obuvubuka bwo, enaku embiibbi nga gikaali kwiza n'emyaka nga gikaali kusembera bw'olitumula nti Tingisanyukira n'akamu; 2eisana n'omusana n'omwezi n'emunyenye nga gikaali kuzikizibwa, ebireri ne biira amaizi ng'a gamalire okutonnya.3ku lunaku abakuumi b'enyumba kwe balitengerera, abasaiza ab'amaani ne bakutama, n'abo abasa ne balekayo kubanga batono, n'abo abalingizya mu madirisa ne bazikizibwa,4enjigi ne giigalwawo mu luguudo; eidoboozi ery'okwisya nga liikaikane, ne wabbaawo ayimuka olw'okukunga kw'enyonyi, n'abawala bonabona ab'okwemba bwe baliikaikanyizibwa;5Niiwo awo, balitya ekyo ekigulumizibwa, ebitiisya ne bibba mu ngira; n'omulogi gulimulisya, n’eideede lirizitowa, ne piripiri aliwaawo: kubanga omuntu ayaba mu nyumba ye ey'olubeerera, abakungi ne batambulatambula mu nguudo:6omuguwa ogwa feeza nga gukaali kusumulukuka, n'ekibya ekya zaabu nga kikaali kumenyeka, n'ensuwa nga Ekaali kwatika ku nsulo no lupanka nga ekaali kwayatika ku kidiba; 7enfuufu n'eira mu itakali nga bwe yabbaire, omwoyo ne gwiira eri Katonda eyagugabire.8Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonabwona, bw'atumula Omubuulizi; byonabyona butaliimu. 9Era ate kubanga Omubuulizi yabbaire n'amagezi, ne yeeyongera okwegeresya abantu okumanya; Niiwo awo, yafumiintirizanga n'asagira n'aliraanya engero nyingi.10Omubuulzi yasaagiire okubona ebigambo ebikirizibwa, n'ebyo ebyawandiikiibwe n'obugolokofu, niibyo ebigambo eby'amazima. 11Ebigambo eby'abagezigezi biri ng'emiwunda, era ebigambo eby'ebifunvu by'amakuŋaaniro biri ng'eninga egikomererwa okusa. ebiweebwa okuva eri omusumba omumu.12Era ate, mwana wange, labuka: okukolanga ebitabo ebingi kubulaku gye kukoma; n'okwega einu kukooya omubiri.13Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonabyona biwuliirwe: otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo niibyo byonabyona ebigwanira omuntu. 14Kubanga Katonda alisala omusango gwa buli mulimu, wamu na buli kigambo ekyagisiibwe, oba nga kisa oba nga kibbiibi.
1Olwembo olusinga enyembo, niilwo lwa Sulemaani 2Anywegere n'okunywegera kw'omunwa gwe: Kubanga okutaka kwo kusinga omwenge obusa. 3Amafuta go gawunya akaloosa; Eriina lyo liringa amafuta agafukibwa; Abawala abatamaite musaiza kyebaviire bakutaka. 4Mpalula twakusengererya mbiro: Kabaka anyingiirye mu bisenge bye: Twakusanyukira ne tujaguza, Okutaka kwo twakutumulaku okusinga omwenge: Bakutaka lwe nsonga.5Ndi mwirugavu, naye musa, Imwe abawala ba Yerusaalemi, Ng'eweema egy'e Kedali. Ng'amagigi ga Sulemaani. 6Temuningirira kubanga ndi mwirugavu. Kubanga omusana gunjokyerye. Abaana ba mawange bansuguwalira, Banfuula omukuumi w'ensuku egy'emizabbibu; Naye olusuku lwange nze tinalukuumire.7Nkobera, iwe emeeme yange gw'entaka, Gy'oliisirye ekisibo kyo, gy'okigalamirirye mu ituntu; Kubanga nandibbereire ki ng'avaire ekibiika ku maiso Awali ebisibo bya bainawo?8Oba nga tomaite, iwe asinga abakali bonabona obusa, Fuluma okwate engira osengererye ebigere by'entama gyo, Oliisirye abaana b'embuli gyo awali eweema egy'abasumba.9Nkufaananirye, ai muganzi wange, Embalaasi eri ku magaali ga Falaawo. 10Amatama go masa n'emivumbo emiruke, Ensingo yo nsa n'embu egy'eby'obuyonjo. 11Twakukolera emivumbo egya zaabu N'amapeesa age feeza.12Kabaka bwe yabbaire ng'atyaime ku meeza ye, Amafuta gange ag'omusita ne gawunya akaloosa kaago. 13Muganzi wange ali gye ndi ng'omuvumbo gwa mooli, Oguteekebwa wakati w'amabeere gange. 14Muganzi wange ali gye ndi ng'ekisaaganda ky'ebimuli ebya kofera Mu nsuku egy'emizabbibu egy'e Engedi.15Bona, oli musa, iwe antaka; Bona, oli musa; Amaiso go mayemba.16Bona, oli musa, muganzi wange, niiwo awo, wo kusanyusa: Era ekitanda kyaisu kya makoola matomato. 17Emikiikiro gy'enyumba yaisu mivule, N'enzooba gyaisu nkanaga:Olwembo Lwa Sulemaani
1Nze ndi kimyula kya Saloni, Eiranga ery'omu biwonvu. 2Ng'eiranga mu mawa, Gwe ntaka bw'ali atyo mu bawala.3Ng'omucungwa mu misaale egy'omu kibira, Muganzi wange bw'ali atyo mu balenzi. Natyaime wansi w'ekiwolyo kye n'eisanyu lingi, Ebibala bye ne biwoomera amatama gange. 4Yanyingiirye mu nyumba ey'okuliiramu embaga, Ne bendera ye eyabbaire ku nze kutaka:5Munkwatirire n'eizabbibu enkalu, munsanyusye n'amacungwa; Kubanga okutaka kundwairye. 6Omukono gwe omugooda guli wansi w'omutwe gwange, N'omukono gwe omulyo gunkwaite.7Mbalayirya, imwe abawala ba Yerusaalemi, Olw'empeewo n'enjaza egy'omu itale, Muleke okugolokosya waire okuzuukusya okutaka, Okutuusya we kwatakira.8Eidoboozi lya muganzi wange! Bona, aiza, Ng'abuukirabuukira ku nsozi, ng'akinira ku busozi. 9Muganzi wange ali ng'empeewo oba enangaazi entonto: Bona ayemerera enyuma w'olukomera lwaisu, Alengezya mu dirisa, Yeeraga ng'abonekera mu mulimu ogulukibwa ogw'omu kituli.10Muganzi wange yatumwire n'ankoba Nti Golokoka, gwe ntaka, omusa gye ndi, twabe tuveewo. 11Kubanga, bona, omutoigo guweireku Amaizi gabitire gaabire;12Ebimuli bibonekere ku itakali; ebiseera bituukire enyonyi mwe gyembera, N'eidoboozi lya kaamukuukulu liwulirwa mu nsi yaisu; 13Omutiini gwengeirye eitiini lyagwo eibisi, N'emizabbibu gimulisirye, Giwunya akaloosa kaagyo. Golokoka, gwe ntaka omusa gye ndi, twabe tuveewo.14Ai eiyemba lyange, abba mu njatika egy'omu ibbaale, mu bwegisiro obw'eibbanga, Mbone amaiso go, mpulire eidoboozi lyo; Kubanga eidoboozi lyo isa n'amaiso go ga kusanyusa.15Mutukwatire ebibbe, ebibbe ebitobito ebyonoona ensuku egy'emizabbibu; Kubanga ensuku gyaisu egy'emizabbibu gimulisirye.16Muganzi wange wange, nzeena ndi wuwe: Aliisirye ekisibo kye mu malanga. 17Okutuusya obwire nga bukyeire ebiworyo ne biirukira dala, Kyuka, muganzi wange, obbe ng'empeewo oba enangaazi entonto Ku nsozi egya Beseri.
1Obwire ku kitanda kyange nasagiire omusaiza emeeme yange gw'etaka: Namusagiire naye ni ntamubona. 2Ne ntumula nti Nagolokoka atyanu ne ntambulatambula mu kibuga, Mu nguudo no mu bifo ebigazi, Nasagira omusaiza emeeme yange gw'etaka: Namusagiire, naye ni ntmubona .3Abakuumi abatambulatambula mu kibuga ne bambona: Ne mbakoba nti Muboine oyo emeeme yange gw'etaka? 4Nabbaire mbabitireku kadiidiiri, Ne nembona oyo emeeme yange gw'etaka: Ne munywezya ne ntaikiriya kumulekula, Okutuusya lwe namuleetere mu nyumba ya mawange, no mu kisenge ky'oyo anzaala.5Mbalayirya, imwe abawala ba Yerusaalemi, Olw'empuuli n'enjaza egy'omu itale, Muleke okugolokokya waire okuzuukya okutaka, Okutuusya we kwatakira.6Yani ono aiza ng'aniina ng'ava mu idungu afaanana empango egy'emiika, Asiigibwa eby'akaloosa ebya mooli n'omusita, N'obulezi bwonabwona obw'omusuubuzi? 7Bona, niiko kadyeri ka Sulemaani; Abasaiza ab'amaani nkaaga bakeetooloire, Ku basaiza ab'amaani aba Isiraeri.8Bona bakwata ekitala, ba magezi okulwana: Buli muntu yeesiba ekitala kye mu nkeende, Olw'entiisya obwire. 9Kabaka Sulemaani yeekolera entebe ey'emisaale egy'oku Lebanooni.10Empango gyayo yagikolere gye feeza. Wansi waayo zaabu, entebe yaayo lugoye lwe fulungu, Wakati waayo nga waalire n'okutaka, Okuva eri abawala ba Yerusaalemi. 11Mufulume, imwe abawala ba Sayuuni, mulingirire kabaka Sulemaani, Ng'alina engule maaye gy'amutiikiriire ku lunaku kw'afumbiriirwe, Era ku lunaku Omwoyo gwe kwe gusanyukira.
1Obwire ku kitanda kyange nasagiire omusaiza emeeme yange gw'etaka: Namusaagiire naye ne nentamubona.2Amainu go gali ng'eigana ly'entama egyakaiza gisalibweku ebyoya, Eginiinire okuva mu kunaabibwa; Buli imu ku igyo ng'ezaire abaana abalongo, So tekuli ku igyo efiiriirwe n'eimu.3Emimwa gyo giri ng'ewuzi ey'olugoye olutwakaali, N'omunwa gwo musa: Ekyeni kyo kiri ng'ekitundu ky'eikomamawanga Enyuma w'olugoye lw'obiikire ku maiso.4Ensingo yo eri ng'ekigo kya Dawudi ekyazimbibwa okugisamu ebyokulwanisya, Omuwanikibwa engabo olukumi, Engabo gyonagyona egy'abasaiza ab'amaani. 5Amabeere go gombiri gali ng'abalongo ababiri abaana b'empeewo, Abaliira mu malanga.6Okutuusya obwire nga bukyeire, ebiwolyo ne biirukira dala, Neyabirra eri olusozi olwa mooli. N'eri akosozi ak'omusita. 7Oli musa wenawena, gwe ntaka; So ku iwe kubulaku ibala.8Iza twabe fembiri okuva ku Lebanooni, mugole wange, Fembiri okuva ku Lebanooni: Lengera ng'oyema ku ntiiko ya Amana, Ku ntiiko ya Seniri no Kerumooni, Ng'oyema awali empuku ey'empologoma, Ku nsozi egy'engo.9Osanyusirue omwoyo gwange mwanyinanze, mugole wange Osanyusirye omwoyo gwange n'eriiso lyo erimu, N'omuguufu ogumu ogw'omu ikoti lyo.10Okutaka kwo nga kusa mwanyinanze, mugole wange Okutaka kwo nga kusinga inu omwenge; N'amafuta go ag'omusita nga gasinga inu eby'akaloosa eby'engeri gyonagyona okuwunya okusa! 11Omunwa gwo, ai mugole wange, gutonya ag'ebisenge by'enjoki: Omubisi gw'enjoki n'amata biri wansi w'olulimi lwo; N'okuwunya kw'ebivaalo byo kuli ng'okuwunya kwe Lebanooni.12Mwanyinanze, mugole wange, niilwo lusuku olwasibiibwe; Niiyo ensulo eyabisibiibwe, niiyo ensulo eyateekeibweku akabonero. 13Ebimera byo lusuku lwe mikomamawanga, olulina ebibala eby'omuwendo omungi; Kofera n'emisaale egy'omusita: 14Omusita ne kalikomu, Kalamo ne kinamomo, n'emisaale gyonagyona egy'omusita; Mooli ne akalosi, wamu n'eby'akaloosa byonabyona ebisinga obusa.15Niiwe nsulo y'enimiro, Ensulo y'amaizi amalamu, Era emiiga egikulukuta egiva ku Lebanooni. 16Muzuuke, imwe embuyaga egiva obukiika obugooda; naimwe mwize, egy’obukiika obulyo: Mukuntire ku nimiro yange, eby’akaloosa ebyamu bikulukute. Muganzi wange aize mu nnimiro ye; Alye ebibala bye eby'omuwendo omungi.Olwembo Lwa Sulemaani
1Nzigizire mu nimiro yange, mwanyinanze mugole wange: Nogere mooli yange n'eby'akaloosa byange; Ndiire ebisenge byange eby'enjoki n'omubisi gwange; Nywire omwenge gwange n'amata gange. Mulye, imwe ab'omukwanu; Munywe, niiwo awo, mwikute, imwe baganzi bange.2Nabbaire ngonere, naye omwoyo gwange nga gubona: Niiryo eidoboozi lyo muganzi wange, akoona ng'atumula nti Njigulira, mwanyinanze, gwe ntaka, eiyemba lyange, owange abulaku eibala: Kubanga omutwe gwange guzubire omusulo, Emivumbo gy'enziiri gyange gizubire amatondo agobwire.3Nvaire ekizibawo kyange; naakivaala ntya? Nabire ebigere: nabyonoona ntya? 4Muganzi wange n'ayingirya omukono gwe awali ekituli eky'omu lwigi, Omwoyo ne gunuma ku lulwe.5Ne ngolokoka okwigulirawo muganzi wange; Emikono gyange ne gitoonya mooli, N'engalo gyange nga gitoonya mooli ekulukuta, Ku mikonda egy'ekisiba.6Ne njigulirawo muganzi wange; Naye muganzi wange yabbaire nga yeeyabiire, ng'aviirewo. Omwoyo gwange gubbaire guntyemukire bw'atumwire: Ne musagira, naye ne ntasobola kumubona; Ne mweta, naye n'atangiramu.7Abakuumi abatambulatambula mu kibuga ne bambona, Ne bankubba ne bansumita; Abakuumi ba bugwe ne bantoolaku omunagiro gwange.8Mbalayirya, imwe abawala ba Yerusaalemi, bwe mwabona muganzi wange, Mumukoberenga ng'okutaka kwaba kungita.9Muganzi wo, niikyo ki okusinga omuganzi ogondi, Niiwe asinga abakazi bonabona obusa? Muganzi wo niikyo ki okusinga omuganzi ogondi, N'okulayirya n'otulayirya otyo?10Muganzi wange mutukuvu era mumyofu Atabula mu mutwalo. 11Omutwe gwe guli nga zaabu ensa einu dala, Emivumbo gy'enziiri gye gya masade era miirugavu nga namuŋoona.12Amaiso ge gali ng'amayemba ku mbali g'obuyaaka obw'amaizi; Agaanaabibwa n'amata era agaateekebwamu obusa.13Amatama ge gali ng'omusiri ogw'emiido egy'akaloosa, ng'ebifunvu ebimeraku eiva eriwunya okusa; Emimwa gye giri ng'amakoola, nga gitoonya mooli ekulukuta.14Emikono gye giri ng'empeta egya zaabu eziteekebwamu berulo: Omubiri gwe guli ng'omulimu ogw'amasanga ogubikiibweku safiro.15Amagulu ge gali ag'empagi egy'amabbaale amanyiriri agisimbibwa ku biina ebya zaabu ensa: Enfaanana ye eri nga Lebanooni, ewooma einu nayini ag'emivule.16munwa gwe musa inu dala: niiwo awo, yenayena wo kutakibwa. Muganzi wange bw'ali atyo, era bw'ali atyo mukwanu gwange, Imwe abawala ba Yerusaalemi.Olwembo Lwa Sulemaani
1Omuganzi wo ayabire waina, iwe asinga abakali bonabona obusa? Omuganzi wo yeekyusiriirye waina, Tumusagirire wamu naiwe?2Omuganzi wange aserengetere mu nimiro ye mu misiri egy'emiido egy'akaloosa, Okuliira mu nimiro, n'okunoga amalanga. 3Nze ndi wo muganzi wange, ne muganzi wange wange: Aliisya ekisibo kye mu malanga.4Oli musa, ai gwe ntaka, nga Tiruza, Owooma nga Yerusaalemi, we ntiisya ng'eigye eririna ebbendera.5Ntoolaku amaiso go, Kubanga gampangwire. Enziiri gyo giri ng'eigana ly'embuli, Egigalamira ku mpete gy'olusozi Gireyaadi.6Amainu go,gali sooti ng'eigana ly'entaama enkali, Eginiinire okuva mu kunaabibwa; Buli imu ku igyo ng'ezaire abaana abalongo, So kubula ku igyo efiiriirwe n'eimu. 7Ekyeni kyo kiri ng'ekitundu ky'eikomamawanga Enyuma w'olugoye lw'obiikire ku maiso.8Waliwo bakabaka abakali nkaaga, n'abazaana kinaana, N'abawala abatamaite musaiza abatabalika. 9Eiyemba lyange, owange abulaku ibala, ali mumu yenka; Mwana wa maye mumu yenka; Mulonde w'omukali amuzaala. Abawala baamubona ne bamweta eyaweweibwe omukisa; Bakabaka abakali n'abazaana baamubona ne bamutendereza.10Yani oyo aboneka ng'engamba: Omusa ng'omwezi, Atangaliija ng'eisana, Ow'entiisya ng'eigye eririna ebbendera?11N'aserengeteire mu nimiro ey'emere erimu emiramwa, Okubona ebisimbe ebibisi eby'omu kiwonvu, Okubona omuzabbibu oba nga gumulikirye, N'emikomamawanga oba nga gyanyirye. 12Nga nkaali kumanya emeeme yange ne nteeka mu magaali g'abantu bange ab'ekikungu.13Iraawo, Iraawo, iwe Omusulamu; Iraawo, Iraawo, tukulingirire. Kiki ekibatakisya okulingirira Omusulamu, Ng'amakina ga Makanayimu?
1Ebigere byo nga bisa mu ngaito, iwe omwana w'omulangira! Enyingo gy'ebisambi byo giri ng'eby'obuyonjo, Omulimu ogw'emikono gy'omukozi omukabakaba.2Omudondo gwo kikompe kyekulungiriri Omutabuli mwenge gwonagwona ogutabulwa: Ekida kyo ntuumu ye ŋaanu Eyonjebwa n'amalanga.3Amabeere go gombiri gali ng'abalongo ababiri Abaana b'empeewo. 4Eikoti lyo liri ng'ekigo eky'amasanga; Amaiso go gali nga ebidiba ebiri mu Kesuboni, awali omulyango ogw'e Basulabbimu: Enyindo yo eri ng'ekigo eky'oku Lebanooni Ekyolekera Damasiko.5Omutwe gwo guli ku iwe nga Kalumeeri, N'enziiri egy'oku mutwe gwo ng'olugoye olw'efulungu; Kabaka emibumbo gyagyo gimusiba. 6Ng'oli musa ng'owoomerera, Ai gwe ntaka, olw'okusanyusa!7Obuwanvu bwo buno buli ng'olukindu, N'amabeere go ng'ebiyemba by'eizabbibu. 8Natumwire nti Naniina mu lukindu olwo, Naakwata amatabi gaalwo: Amabeere go gabbe ng'ebiyemba eby'oku muzabbibu, N'akawoowo k'omwoka gwo ng'amacungwa;9N'omunwa gwo ng'omwenge ogusinga obusa, Ogumirwa obusa oyo iwe antaka, nga guseeyeeya, Nga gubita mu munwa gy'abo abagonere.10Nze ndi wo muganzi wange, N'okwegomba kwe kuli eri nze. 11Iza, muganzi wange, tufulume mu nsiko; Tugone mu byalo.12Twabe munsuku gy'emizabbibu mu makya; Tubone omuzabbibu oba nga gimulisirye, n'ekimuli kyagwo oba nga kyeyanjululya, N'emikomamawanga oba nga gyanyizirye: Naakuweera eyo okutaka kwange.13Amadudayimu gawunya kaloosa, No ku ngigi gyaisu waliwo ebibala eby'omuwendo omungi eby'engeri gyonagyona, ebiyaka n'ebikaire, Bye nkugisiire, ai muganzi wange.
1Singa obaire nga mugande wange, Eyanyonkere amabeere ga mawange Bwe nandikuboine ewanza, nandikunywegeire; Niiwo awo, so tewandibbairewo eyandinyoomere.2Nandikulekere ne nkuyingirya mu nyumba ya mawange, Eyandinjegeresrye; Nandikunywisirye omwenge ogutabwirwemu eby'akaloosa, Ku maizi g'eikomamawanga lyange. 3Omukono gwe omugooda gwandibbaire wansi w'omutwe gw'ange, N'omukono gwe omulyo gwandimpambaatiire.4Mbalayirya, imwe abawala ba Yerusaalemi, Muleke okugolokosya waire okuzuukya okutaka, Okutuusya we kwatakira.5Mukali ki ono aiza ng'aniina okuva mu idungu, Nga yeesigikire ku muganzi we? Nakuzuukya wansi w'omucungwa: Eyo mawi gye yalumirwa okukuzaala, Eyo gye yalumiirwe oyo eyakuzaire.6Nteeka ku mwoyo gwo ng'akabonero, ku mukono gwo ng'akabonero: Kubanga okutaka kwekankana okufa amaani; Eiyali lyekankana amagombe obukambwe: Okumyansa kwabwo kumyansa kwo musyo, Okwokya kwene okwa Mukama.7Amaizi amangi tegasobola kulikilya kutaka, So n'ebitaba tebisobola kukwita: Omuntu bw'aikirirya okuwaayo ebintu byonabyona eby'omu nyumba ye olw'okutaka, Yandinyoomereirwe dala.8Tulina mwanyoko waisu omutomuto, Era akaali kubba na mabeere: Tulimukola tutya mwanyoko waisu Ku lunaku lwe balimwogererezeryaku?9Oba nga bbugwe, Tulimuzimbaku ekigo kye feeza, Era oba nga lwigi, Tulimubiikaku embaawo egy'emivule.10Ndi bugwe, n'amabeere gange gali ng'ebigo byaku: Kaisi ne mba mu maiso ge ng'omuntu aboine emirembe.11Sulemaani yalina olusuku lw'emizabbibu e Baalukamooni; Yasigira olusuku abalimi; Olw'ebibala byamu buli muntu yasaliirwe ebitundu ebye feeza lukumi. 12Olusuku lwange olw'emizabbibu, olwange, luli mu maiso gange; iwe, Sulemaani, wabbanga n'olukumi olwo, N'abo abakuuma ebibala byamu bibiri.13Iwe abba mu nimiro, Bainawo bawulisisya eidoboozi lyo: Limpulire.14Yanguwa, muganzi wange, Obbe ng'empeewo oba enangaazi entonto Ku nsozi egy'eby'akaloosa.
1Ati Mukama bwe yankobere nti yaba weegulire olukoba lw'eidiba, weesibe mu nkeende yo, so tolwinika mu maizi. 2Awo ne negulira olukoba, ng'ekigambo bwe kyabbaire ekya Mukama; ni ndwesiba mu nkende yange. 3Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira omulundi ogw'okubiri nga kitumula nti 4Irira olukoba lwe wagulire oluli mu nkende yo, ogolokoke oyabe ku Fulaati, olugisire eyo mu biina oby'o mu lwazi. 5Awo ne nkoba ne ndukugisira ku Fulaati, nga Mukama bwe yandagiire.5Awo ne nkoba ne ndukugisira ku Fulaati, nga Mukama bwe yandagiire. 6Awo olwatuukire enaku nyingi nga gibitirewo Mukama n'ankomba nti golokoka oyabe ku Fulaati otooleyo olukoba lwe nakulagiire okulugisira eyo. 7Awo ne njaba ku Fulaati ne nsima ne ntoola olukoba mu kifo mwe nabbaire ndugisiriire: kale, bona, olukoba nga lwonoonekere, nga lubulaku kye lugasa.6Awo olwatuukire enaku nyingi nga gibitirewo Mukama n'ankomba nti golokoka oyabe ku Fulaati otooleyo olukoba lwe nakulagiire okulugisira eyo. 7Awo ne njaba ku Fulaati ne nsima ne ntoola olukoba mu kifo mwe nabbaire ndugisiriire: kale, bona, olukoba nga lwonoonekere, nga lubulaku kye lugasa.8Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 9Ati bw'atumula Mukama nti ntyo bwe ndyonoona amalala ga Yuda n'amalala amangi aga Yerusaalemi. 10Abantu bano ababbiibi abagaana okuwulira ebigambo byange, abatambulira mu bukakanyali bw'omwoyo gwabwe, era basengereirye bakatonda abandi okubaweereryanga n'okubasinzanga, balibbeerera dala ng'olukoba luno olubulaku kye lugasa. 11Kuba olukoba nga bwe lwegaita n'enkende y'omuntu, ntyo bwe negaitire nzena ne enyumba yonnayona eya Isiraeri n'enyumba yonayona eya Yuda, bw'atumula Mukama; kaisi babbenga gye ndi eigwanga era eriina era eitendo era ekitiibwa: naye ne batataka kuwulira.12Kyoliva obakoba ekigambo kino nti Ati bw'atumula Mukama, Katonda wa Isiraeri nti Buli kideku kirizula omwenge boona balikukoba nti titumaite nga buli kideku kiriizula omwenge. 13Awo kaisi obakobere nti ati bw'atumula Mukama nti bona, ndizulya obatamiivu bonabona abali mu nsi eno, bakabaka abatyama ku ntebe ya Dawudi, na bakabona na banabbi, ne bonabona abali mu Yerusaalemi. 14Era ndibatandagira omuntu n'o mwinaye, baitawabwe na batabane baabwe wamu, bw'atumula Mukama: tindisaasira so tindisonyiwa so tindikwatibwa kisa, ndeke okubaikiririsya.15Muwulire, mutege amatu; temubba na malala: kubanga Mukama atumwire. 16Mumuwe Mukama Katonda wanyu ekitiibwa, nga kikaali kuleeta ndikirirya era ng'ebigere byanyu bikaali kwesiitalira ku nsozi egy'endikirirya; era nga bwe musuubira omusana, n'agufuula ekiwolyo eky'okufa n'agwirugalya okubba endikirirya ekwaite. 17Naye bwe mutaliikirirya kuwulira emeeme yange erikunga amaliga kyama olw'amalala ganyu; n'amaiso gange galikunga inu amaliga, ne gakulukuta amaliga, kubanga ekisibo kya Mukama kikwatiibwe.18Koba kabaka n'o namasole nti Mwetoowalye mutyame wansi; kubanga ebiremba byanyu bikaikaine, engule ey'ekitiibwa kyanyu: 19Ebibuga eby'obukiika obulyo biigaliibwewo, so wabula w'o kubigulawo: Yuda atwaliibwe yenayena nga musibe; yenayena atwaliibwe dala nga musibe.20Muyimusye amaiso ganyu mubone abo abava obukiika obugooda: ekisibo kye waweweibwe kiri waina, ekisibo kyo ekisa? 21Olitumula otya, bw'alikuteekaku mikwano gyo okubba omutwe, kubanga iwe mwene niiwe wabegereserye okukukola okubbiibi? obwinike tebulikukwata ng'omukali alumwa okuzaala?22Era bw'ewatumulira mu mwoyo gwo nti ebigambo bino bingiziire lwaki? olw'obutali butuukirivu bwo kubanga bungi, ebirenge byo kyebiviire bibiikulwaku, n'ebityero byo bikolerwa ekyeju. 23Omuwesiyopya asobola okuwaanyisya omubiri gwe, oba nga amabala gaayo? kale mwena musobola okukola okusa abaamanyiira okukola okubbiibi. 24Kyendiva mbasansanya ng'ebisasiro ebivaawo olw'embuyaga egy'omu idungu.25Kano niiko kalulu ko, omugabo gwe nakugereire, bw'atumula Mukama; kubanga waneerabiire ne weesiga obubbeyi. 26Nzena kyendiva mbiikula ku birenge byo ku maiso go, n'ensoni gyo giriboneka. 27Naboine emizizo gy'o, bwenzi bwo n'okubbebbera kwo, obukaba obw'okwenda kwo, ku nsozi egy'omu itale. Gikusangire, ai Yerusaalemi totaka kulongoosebwa; ebyo birituukya waina okubbaawo ate?
1Zedekiya yabbaire yakamala emyaka abiri na gumu bwe yaliire obwakabaka; n'afugira emyaka ikumi na gumu mu Yerusaalemi: n'o maye eriina lye yabbaire Kamutali muwala wa Yeremiya ow'e Libuna. 2N'akolanga ebyo ebyabbaire mu maiso ga Mukama ebibbiibi, nga byonabyona bwe byabbaire Yekoyakimu bye yabbaire akolere. 3Kubanga kyatuukiriire olw'obusungu bwa Mukama mu Yerusaalemi ne Yuda okutuusya lwe yamalire okubasuula okuva mu maiso ge: era Zedekiya n'ajeemera kabaka w'e Babulooni.4Awo olwatuukire mu mwaka ogw'omwenda ogw'okufuga kwe mu mwezi ogw'eikumi ku lunaku olw'omwezi olw'eikumi Nebukaduneeza kabaka w'e Babulooni n'aiza, iye n'eigye lye lyonalyona, okutabaala Yerusaalemi n'asiisira okukyolekera; ne bakizimbaku ebigo enjuyi gyonagyona. 5Awo ekibuga ne kizingizibwa okutuuka ku mwaka ogw'eikumi n'ogumu ogwa kabaka Zedekiya.6Mu mwezi ogw'okuna ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi enjala n'ebba nyingi mu kibuga, ne watabbaawo mere eri abantu ab'omu nsi. 7Awo ne bawagula ekituli mu kibuga, abasaiza bonabona abalwani ne bairuka ne bafuluma mu kibuga obwire mu ngira ey'omulyango wakati mu babugwe ababiri, ogwaliraine olusuku lwa kabaka; (era Abakaludaaya babbaire bazingizirye ekibuga) enjuyi gyonagyona ne babiita mu ngira eya Alaba. 8Naye eigye ery'Abakaludaaya ne basengererya kabaka Zedekiya ne bamubitirya mu nsenyu egy'e Yeriko; eigye lyonalyona ne lisaansaana okumuvaaku.9Awo ne bawamba kabaka, ne bamwambukya eri kabaka w'e Babulooni e Libula mu nsi ey'e Kamasi; n'amusalira omusango. 10Awo kabaka w'e Babulooni n'aita bataane ba Zedekiya iye ng'abona: era n'aitira n'abakungu bonabona aba Yuda e Libula. 11Zedekiya n'amutoolamu amaiso; kabaka w'e Babulooni n'amusiba mu masamba n'amutwala e Babulooni, n'amuteeka mu ikomera okutuusya ku lunaku kwe yafiire.12Awo mu mwezi ogw'okutaanu ku lunaku olw’eikumi olw'omwezi, niigwo mwaka ogw'eikumi n'omwenda ogwa kabaka Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni, Nebuzaladaani mukulu w'abambowa, eyayemereranga mu maiso ga kabaka w’e Babulooni, n'aiza mu Yerusaalemi: 13n'ayokya enyumba ya Mukama n'e nyumba ya kabaka; n'enyumba gyonagyona egy'omu Yeusaalemi, buli nyumba enene n'agyokya omusyo. 14N'eigye lyonalyona ery'Abakaludaaya ababbaire wamu n'omukulu w'abambowa ne bamenya bugwe yenayena ow'e Yerusaalemi enjuyi gyonagyona.15Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa nga basibe ku abo abasinga obwavu ku bantu n'ekitundu ekifiikirewo ku bantu ekyabbaire kisigaire mu kibuga n'abo ababbaire basengukire, abasengere kabaka w’e Babulooni, n'ekitundu ekyabbaire kisigairewo eky'abakopi. 16Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'aleka ku abo abasinga obwavu mu nsi okulongoosyanga emizabbibu n'okulimanga.17N'empango egy'ebikomo egyabbaire mu nyumba ya Mukama n'entebe n'enyanza ey'ekikomo ebyabbaire mu nyumba ya Mukama Abakaludaaya ne babimenyaamenya, ne batwala e Babulooni ebikomo byabyo byonabyona. 18Era n'entamu n'ebisena n'ebisalaku ebisiriirya n'ebibya n'ebijiiko n'ebintu byonabyona eby'ebikomo bye baaweereryanga nabyo ne babitwala. 19N'ebikompe n'emumbiro n'ebibya n'entamu n'ebikondo n'ebijiiko n'obibya; ebyabbaire ebye zaabu, mu zaabu, n'ebyo ebyabbaire ebye feeza, mu feeza, omukulu w'abambowa bwe yabitwaire atyo.20Empango gyombiri, enyanza eimu, n'ente enume egy'ebikomo eikumi n'eibbiri egyabbaire wansi w'entebe, kabaka Sulemaani bye yakoleire enyumba ya Mukama: ebikomo eby'ebintu ebyo byonabyona tebyapimikire. 21N'empango, obuwanvu bw'empango eimu emikono ikumi na munaana; n'omuguwa ogw'emikono ikumi n'eibiri gwagyetoolooire; n'obugazi bwayo bwabbaire engalo ina: yabbairemu omuwulukwa.22Era yabbaireku omutwe ogw'ekikomo; n'omutwe gumu obuwanvu bwagwo emikono itaanu, omutwe nga guliku ebitimba n'amakomamawanga enjuyi gyonagyona, byonabyona bye bikomo: n'empango ey'okubiri yoona yabbaireku ebifaanana ebyo n'amakomamawanga. 23Era ku mpete kwabbaireku amakomamawanga kyenda mu mukaaga; amakomamawanga gonagona gabbaire kikumi ku bitimba enjuyi gyonagyona.24Awo omukulu w'abambowa n'atwala Seraaya kabona asinga obukulu ne Sefaniya kabona ow'okubiri n'abaigali abasatu: 25n'atoola mu kibuga omwami eyatwalanga abasaiza abalwani; n'abasaiza musanvu ku abo ababonanga amaiso ga kabaka, ababobekere mu kibuga; n'omuwandiiki ow'omukulu w'eigye eyayolesyanga abantu ab'omu nsi; n'abasaiza nkaaga ab'oku bantu ab'omu nsi ababonekere mu kibuga wakati.26Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'abatwala n'abaleeta eri kabaka w'e Babulooni e Libula. 27Kabaka w'e Babulooni n'abasumita n'abaitira e Libula mu nsi ey'e Kamasi. Awo Yuda n'atwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.28Bano niibo bantu Nebukaduneeza be yatwaire nga basibe: mu mwaka ogw'omusanvu Abayudaaya enkumi isatu mu abiri mu basatu: 29mu mwaka gwa Nebukaduneeza ogw'eikumi n'omunaana n'atwala nga basibe okubatoola e Yerusaalemi abantu lunaana mu asatu mu babiri: 30mu mwaka gwa Nebukadduneeza ogw'abiri n'eisatu Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala nga basibe ku Bayudaaya abantu lusanvu mu ana mu bataano: abantu bonabona babbaire enkumi ina mu lukaaga.31Awo olwatuukire mu mwaka ogw'asatu mu musanvu ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka we Yuda, mu mwezi ogw'eikumi n'eibiri ku lunaku olw'abiri ne itaanu Evirumerodaaki kabaka w'e Babulooni mu mwaka ogw'oluberyeberye ogw'okufuga kwe n'ayimusya omutwe gwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, n'amutoola mu ikomera;32n'atumula naye eby'ekisa, n'agulumirya entebe ye okusinga entebe gya bakabaka ababbaire awamu naye mu Babulooni. 33N'awaanyisya ebivaalo bye eby'omu ikomera, n'aliiranga emere buliijo mu maiso ge enaku gyonagyona egy'obulamu bwe. 34Era okumuliisyanga kabaka w'e Babulooni n'amusalira ebyenkalakalira, omugabo ogw'oku buli lunaku okutuusya ku lunaku kwe yafiire, enaku gyonagyona egy'obulamu bwe. ukama.
1Awo olwatuukire mu mwaka ogw'asatu mu mwezi ogw'okuna ku lunaku olw'omwezi olw'okutaanu, bwe nabbaire ndi mu basibe ku mbali kw'omwiga Kebali, eigulu ne libiikulibwa, ni mbona okwolesebwa kwa Katonda. 2Ku lunaku olw'okutaanu olw'omwezi, niigwo gwabbaire omwaka ogw'okutaanu ogw'okusibibwa kwa kabaka Yekoyakini, 3ekigambo kya Mukama ne kiziriira dala Ezeekyeri kabona mutaane wa Buuzi mu nsi ey'Abakaludaaya ku mbali kw'omwiga Kebali; omukono gwa Mukama ne gubba ku iye eyo.4Awo ni moga, era, bona, empunga egikunta olw'amaani ni gifuluma obukiika obugooda, ekireri ekinene n'omusyo ogw'ezingazinga n'okumasamasa okukyetooloire, era mu igwo wakati ne muvaamu ng'eibala erye zaabu etabwirwemu efeeza, eriva mu musyo wakati. 5Era mu igwo wakati ni muva ekifaananyi eky'ebiramu bina. N'embala yaabyo yabbaire eti; byabbaire ekifaananyi eky'omuntu. 6Era buli kimu kyabbaire n'obweni buna, era buli kimu ku ibyo kyabbaire n'ebiwawa bina.7N'ebigere byabyo byabbaire n'ebigere bigolokofu; n'o munda w'ebigere byabyo nga mufaanana munda w'ekigere ky'enyana: era nga bitangaliija ng'eibala ery'ekikomo ekizigule. 8Era byabbaire n'emikono gy'omuntu wansi w'ebiwawa byabyo ku mpete gyabyo ina: era ebyo ebina byabbaire n'obweni bwabyo n'ebiwawa byabyo biti; 9ebiwawa byabyo byagaitibwe buli kiwawa ne kinaakyo; tibyakyukire bwe byatambwire; byayabire buli kimu nga byesimbire.10Ekifaananyi ky'obweni bwabyo, byabbaire n'obweni bw'omuntu; era ebyo ebina byabbaire n'obweni bw'empologoma ku lumpete olugooda; era ebyo ebina byabbaire n'obweni bw'ente ku lumpete olugooda; ebyo byonabyona byabbaire n'obweni bw'eikookooma. 11N'obweni bwabyo n'ebiwawa byabyo byabbaire nga byawukire waigulu; ebiwawa bibiri ebya buli kimu byagaitiibwe wamu, n'ebibiri byasandikiire empete gyabyo. 12Era buli kimu byayabire nga byesimbire: omwoyo gye gwabanga gwaba, gye byayabire; tebyakyukire bwe byayabire.13Ekifaananyi ky'ebiramu ebyo, embala yaabyo yabbaire ng'ebisiriirya eby'omusyo ebyaka, ng'embala ey'engada; yayambukanga n'eikira wakati mu biramu ebyo: era omusyo nga gumasamasa n'o mu musyo ne muva enjota. 14Ebiramu ne biiruka mbiro ne biirawo ng'ekifaananyi eky'okumyansa kw'eigulu.15Awo bwe nabbaire nga ningiria ebiramu ebyo, bona, olupanka ku itakali ku mbali kw'ebiramu, buli bweni ku bweni bwabyo obuna olupanka olumu. 16Embala eyo lupanka n'omulimu gwabwe baafaanana eibala erya berulo: era abo abana babbaire n'ekifaananyi kimu: n'embala yaabwe n'omulimu gwabwe byabbaire nga olupanka oluli wakati w'o lupanka.17Bwe gyatambulanga gyatambuliranga ku mpete gyabwe eina: tibaakyukire bwe batambwire. 18Obwekulungirivu bwagyo bwabbaire buwanvu, bwe ntiisya; era abo abana babbaire obwekulungirivu bwabwe nga bwizwire amaiso enjuyi gyonagyona.19Era ebiramu bwe byatambulanga, empanka batambuliranga ku mbali kwagyo: era ebiramu bwe byasitulibwanga okuva ku itakali, empanka gyasitulibwanga. 20Omwoyo buli gye gwabbanga gwaba, gye gyayabanga; eyo omwoyo gye gwabbanga gwaba: ne mpanka baasitulibwanga ku mbali kwagyo; kubanga omwoyo ogw'ekiramu gwabbaire mu mpanka. 21Ebyo bwe byatambulanga, ne gino gyatambulanga; era ebyo bwe byayemereranga, ne gino gyayemeranga; era ebyo bwe byasitulibwanga okuva ku itakali, empanka gyasitulibwanga ku mbali kwagyo: kubanga omwoyo ogw'ekiramu gwabbaire mu mpanka.22Era waigulu w'omutwe ogw'ekiramu wabbairewo ekifaananyi eky'eibbanga, ng'eibala erya kulusitalo ow'entiisya, nga kitimbiibwe ku mitwe gyabyo waigulu. 23Era wansi w'eibbanga ebiwawa byabyo byabbaire bigolokofu, ekimu kyabbaire bibiri ebyasaanikiire eruuyi, na buli kimu kyabbaire bibiri ebyasaanikiire eruuyi ku mpete gyabyo.24Era bwe byatambulanga, ni mpulira okuwuuma kw'ebiwawa byabyo ng'okuwuuma kw'amaizi amangi, ng'eidoboozi ly'Omuyinza w'ebintu byonabyona, okuwuuma okw'oluyoogaanu ng'okuwuuma kw'eigye: bwe byemereranga, ne biikya ebiwawa byabyo. 25Era wabbairewo eidoboozi waigulu w'eibbanga eryabbaire waigulu w'emitwe gyabyo: bwe byayemereranga, ne biikya ebiwawa byabyo.26Era waigulu w'eibbanga eryabbaire waigulu w'emitwe gyabyo kwabbaireku ekifaananyi eky'entebe, ng'embala ey'eibbaale eya safiro: n'o ku kifaananyi eky'entebe kwabbaire ku ekifaananyi ng'embala ey'omuntu ku iyo waigulu.27Ne mbona ng'eibala ery'ezaabu etabwirwemu efeeza, ng'embala ey'omusyo munda mu iyo enjuyi gyonagyona, okuva ku mbala y'enkende ye n'okwambuka; era okuva ku mbala y'enkende ye n'okwika, naboine ng'embala ey'omusyo, era wabbairewo okumasamasa okumwetooloire. 28Ng'embala eya musoke abba ku kireri ku lunaku olw'amaizi, etyo bwe yabbaire, mu embala ey'okumasamasa enjuyi gyonagyona. Eno niiyo yabbaire embala ey'ekifaananyi eky'ekitiibwa kya Mukama. Awo bwe nakiboine, ni nvuunama amaiso gange, ni mpulira eidoboozi ly'oyo eritumula.
1N'ankoba nti Omwana w'omuntu, yemerera ku bigere byo nzena natumula naiwe. 2Kale omwoyo ni guyingira mu nze bwe yatumwire nanze, ni gwemererya ku bigere byange; ni mpulira oyo etumula nanze. 3N'ankoba nti omwana w'omuntu, nkutuma eri abaana ba Isiraeri eri amawanga amajeemu, abanjeemeire: ibo na bazeiza baabwe bansobyanga okutuukira dala ku lunaku olwa watyanu.4N'abaana be kyeju, era be myoyo mukakanyali; nkutuma eri abo: era olibakoba nti ati bw'aumula Mukama Katonda. 5Boona, oba nga baawulira, oba nga baalekayo, (kubanga nyumba njeemu era naye balimanya nga mu ibo mubbairemu nabbi.6Weena omwana w'omuntu, tobatyanga, so totyanga bigambo byabwe, waire emyeramainu n'amawa nga biri naiwe, era ng'obba mu njaba egy'obusagwa: totyanga bigambo byabwe, so tokeŋentererwanga olw'amaiso gaabwe, waire nga nyumba njeemu.7Era olibakoba ebigambo byange oba nga bawulira) oba nga balekayo: kubanga bajeemu inu dala. 8Naye iwe, omwana w'omuntu, wulira kye nkukoba tobbanga iwe mujeemu ng'enyumba eyo enjeemu: yasama omunwa gwo olye ekyo kye nkuwa:9Awo bwe namogere, bona, omukono gugololwa eri nze; era, bona, omuzingo gw'ekitabo nga guli omwo; 10n'agwanjululilya mu maiso gange; era gwawandiikiIbwe munda n'o kungulu: era mwawandiikiibwemu okuwuubaala n'okukungubaga n'obwinike.
1Awo n'ankoba nti mwana w'omuntu, lya ekyo ky'osanga; lya omuzingo guno, oyabe okobe enyumba ya Isiraeri. 2Awo ni njasama omunwa gwange n'andiisya omuzingo. 3N'ankoba nti omwana w'omuntu, liisya ekida kyo, oizulye ebyenda byo omuzingo guno gwe nkuwa.44 Awo n'ankoba nti mwana w'omuntu, yaba otuuke eri enyunba ya Isiraeri, otumule nabo ebigambo byange. 5Kubanga totumiibwe eri eigwanga ery'entumula gy'otomaite era ab'olulimi oluzibu, wabula eri enyumba ya Isiraeri; 6ti eri amawanga amangi ab'entumula gy'otomaite era ab'olulimi oluzibu, b'otosobola kutegeera bigambo byabwe. Mazima singa nkubatumiire ibo, bandikuwuliire. 7Naye enyumba ya Isiraeri tibalikuwulira; kubanga tebalimpulira nze: kubanga enyumba yonayona eya Isiraeri be kyeni kigumu era b'o mwoyo mukakanyali.8Bona, nkalubirye amaiso go awali amaiso gaabwe, n'ekyeni kyo nkikalubirye awali ekyeni kyabwe. 9Nfiire ekyeni kyo ng'alimasi okukaluba okusinga eibbaale ery'embaalebbaale: obatyanga, so tokeŋentererwanga olw'amaiso gaabwe, waire nga enyumba njeemu.10Era ate n’ankoba nti Omwana w'omuntu, ebigambo byange byonabyona bye ndikubuulira, biikirirye mu mwoyo gwo, owulire n'amatu go. 11Era yaba otuuke eri abo ab'obusibe, eri abaana ab'abantu bo, otumule nabo obakobere nti ati bw'atumula Mukama Katonda, oba nga okaali kuwulira, oba nga balekayo.12Awo omwoyo ni gunsitula, ni mpulira enyuma wange eidoboozi ery'okuwulukuka okunene nga litumula nti ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe okuva mu kifo kye. 13Awo ni mpulira okuwuuma kw'ebiwawa by'ebiramu nga bikomaganaku, n'okuwuuma kwe mpanka ku mbali kwabyo, okuwuuma okuwulukuka okunene.14Awo omwoyo ni gunsitula ne guntwala: ni njaba nga ndiku obuyinike n'omwoyo gwange nga gubugumire, omukono gw'a Mukama ne gubba gw'amaani ku nze. 15Awo kaisi ne ngiza eri ab'obusibe e Terabibu, ababbaire ku mwiga Kebali, n'o mu kifo mwe babbbaire; ne ntyama awo mu ibo nga nsamaaliriire ne mala enaku musanvu.16Awo olwatuukire enaku musanvu bwe gyabitirewo, ekigambo kya Mukama ni kingizira nga kitumula nti 17Omwana w'omuntu nkufiire omukuumi eri enyumba ya Isiraeri: kale wulira ekigambo eky’omu munwa gwange, obawe okubona okuva gye ndi. 18Bwe nkoba omubbiibi nti Tolireka kufa; naiwe n'otomulabula so totumula okulabula omubbiibi okuva mu ngira ye embiibbi okuwonya obulamu bwe: omubbiibi oyo alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo. 19Era naye bw'olabula omubbiibi, n’atakyuka okuleka obubbiibi bwe waire okuva mu ngira ye embiibbi, alifiira mu butali butuukirivu bwe; naye iwe ng'owonyerye emeeme yo.20Ate omuntu omutuukirivu bw'akyuka okuleka obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, nzena ni nteeka enkonge mu maiso ge, alifa: kubanga tomulabwire, alifiira mu kibbiibi kye, n'ebikolwa bye ebituukirivu bye yakolere tibirijukirwa; naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo. 21Era naye bw'olabula omuntu omutuukirivu, omutuukirivu aleke okukola ekibbiibi n'atakola kibbiibi, mazima alibba mulamu, kubanga alabukire; weena ng'owonyerye emeeme yo.22Awo omukono gw'a Mukama ne gubba ku nze eyo; n'ankoba nti Golokoka ofulume oyabe mu lusenyu, nzena nditumula naiwe eyo. 23Awo ni ngolokoka ni nfuluma ni njaba mu lusenyu kale, bona, ekitiibwa kya Mukama nga kyemereire eyo, ng'ekitiibwa bwe kyabbaire kye naboine ku lubalama lw'omwiga Kebali ni nvuunama amaiso gange.24Awo omwoyo ni guyingira mu nze ni gunyemererya ku bigere byange, n'atumula nanze n'ankoba nti Yaba weigalire mu nyumba yo. 25Naye iwe, omwana w'omuntu, bona, balikuteekaku enjegere, ni bagikusibisya, so tolifuluma mu ibo:26era ndigaita olulimi lwo n'ekijigo kyo, obbe kasiru era oleke okubba gye bali anenya: kubanga nyumba njeemu. 27Naye bwe ntumula naiwe, ndyasamya omunwa gwo, weena olikoba nti ati bw'atumula Mukama Katonda nti Awulira awulire; n'oyo alekayo alekeyo; kubanga nyumba njeemu.
1Era, omwana w'omuntu, weiririrye eitafaali oliteeke mu maiso go, oliwandiikeku ekibuga, Yerusaalemi: 2okizingizye, okizimbireku ebigo, okituumireku ekifunvu; era teekawo ensiisira okukirumba, okisimbeku ebikomera enjuyi gyonagyona. 3Era weiririirye ekikalango eky'ekyoma okiteekewo okubba bugwe ow'ekyoma wakati wo n'ekibuga: okiteekeku amaiso go, kale kirizingizibwa, weena olikizingizya. Ako kalibba kabonero eri enyumba ya Isiraeri.4Era ate galamiririra ku lumpete lwo olugooda, oluteekeku obutali butuukirivu bw'enyumba ya Isiraeri: ng'omuwendo gw'enaku bwe gulibba gy'oligalamiririra ku ilwo, bw'olyetiika obutali butuukirivu bwabwe. 5Kubanga nteekerewo emyaka egy'obutali butuukirivu bwabwe okubba gy'oli omuwendo gw'enaku, enaku bisatu mu kyenda: otyo bw'olyetiika obutali butuukirivu obw'enyumba ya Isiraeri.6Era ate bw'olibba ng'omalire egyo, oligalamiririra ku lumpete lwo olulyo, olyetiika obutali butuukirivu obw'enyumba ya Yuda: enaku ana, buli lunaku mwaka, bwe nabuteekeirewo gy'oli. 7Era oikye amaiso go eri okuzingizibwa kwa Yerusaalemi, omukono gwo nga gubikwirweku; era olikiraguliraku. 8Era, bona, nkuteekaku enjegere, so tokyukanga okugalamirira ku lumpete olundi, okutuusya lw'olimala enaku egy'okuzingizya kwo.9Era weetwalire eŋaanu ne sayiri n'ebijanjaalo n'o kawo n'omuyemba n'obulo, obiteeke mu kintu ekimu, weedyokolere omugaati nabyo; ng'omuwendo gw'enaku gy'oligalamiririra ku lumpete lwo, enaku bisatu mu kyenda, bw'ewaliirangaku otyo. 10N'emere yo gy'ewalyanga yapimibwanga, sekeri abiri buli lunaku: wagiriiranga mu ntuuko gyayo. 11Era wanywanga amaizi agagerebwa, ekitundu ekya yini eky'omukaaga: wanywiranga mu ntuuko gyago.12Era wagiryanga nge migaati gya sayiri, era wagyokyeryanga mu maizi agava mu bantu, bo nga bandi. 13Awo Mukama n'atumula nti era batyo n'abaana ba Isiraeri balyanga emere yaabwe nga ti nongoofu mu mawanga gye ndibabbingira.14Awo ne ntumula nti woowe, Mukama Katonda! Bona, emeeme yange teyonoonebwanga: kubanga okuva ku butobuto bwange na buli atyanu tindyanga ku ekyo ekifa kyonka waire ekitaagwirwe ensolo; so n'enyama ey'omuzizo teyingiranga mu munwa gwange. 15Awo kaisi nankoba nti bona, nkuwaire obusa bw'ente mu kifo ky'amabbi ag'abantu, era walongoosereryanga okwo omugaati gwo.16Era ate n'ankoba nti Omwana w'omuntu, bona, ndimenya omwigo ogw'omugaati mu Yerusaalemi: kale baalyanga omugaati nga bagupima era nga beeraliikirira; era banywanga amaizi nga bagagera era nga basamaalirira: 17babulwe omugaati n'amaizi, era basamaaliriragane, ne bayongoberera mu butali butuukirivu bwabwe.
1Wena, omwana w'omuntu, irira ekitala eky'obwogi, okyeiririre ng'akamwanu ak'omumwi, okiteeke ku mutwe gwo n'o ku kirevu kyo: kale otwale eminzaani okupima, oyawule mu nziiri. 2Ekitundu eky'okusatu okyokyeryanga mu musyo wakati mu kibuga, enaku egy'okuzingizya nga gituukiriire; n'ekitundu eky'okusatu okiiriiranga, n'otema n'ekitala okukyetooloola; n'ekitundu eky'okusatu okisaansaaniryanga eri empewo, nzena ndisowola ekitala ekiribasengererya.3Era otwalangaku omuwendo gwagyo ti nyingi n'ogisiba mu kirenge kyo. 4Era n'o ku egyo otwalangaku, ogisuule mu musyo wakati, ogyokyerye mu musyo; mu igyo omusyo mwe guliva ogulibuna enyumba yonayona eya Isiraeri.5Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Kino niiyo Yerusaalemi: nkiteekere wakati mu mawanga, n'ensi gikaali gyetooloola. 6Era kyajeemeire emisango gyange nga kikola obubbiibi okusinga amawanga, era kijeemeire amateeka gange okusinga ensi egikyetooloire: kubanga bagaine emisango gyange, n'amateeka gange tebagatambuliiremu.7Mukama Katonda kyava atumula ati nti kubanga muli ba mawagali okusinga amawanga agabeetooloire, so timutambuliire mu mateeka gange, so timukwaite misango gyange, so timukolere ng'ebiragiro bwe biri eby'amawanga agabeetooloire; 8Mukama Katonda kyava atumula ati nti Bona, nze, ninze mwene, ndi mulabe wo; era ndituukirirya emisango wakati mu iwe amawanga nga gabona.9Era ndikolera mu iwe ekyo kye ntakolanga, era kye ntayaba kukola ate ekiri kityo, olw'emizizyo gyo gyonagyona. 10Baitawabwe kyebaliva baliira abaana wakati mu iwe, n'abaana balirya baitawabwe: era ndituukiririrya emisango mu iwe, n'ekitundu kyo kyonakyona ekifiikirewo ndikisaasaanirya eri empewo gyonagyona.11Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama Katonda, kubanga wayonoonere awatukuvu wange n'ebibyo byonabyona eby'ebiive n'ebibyo byonabyona eby'emizizyo, nzena kyendiva nkukendeerya; so n'amaiso gange tegalisonyiwa so nzena tindikwatibwa kisa. 12Ekitundu kyo eky'okusatu kirifa kawumpuli, era balimalibwawo n'enjala wakati mu iwe; n'ekitundu eky'okusatu kirigwa n'ekitala okukwetooloola; n'ekitundu eky'okusatu ndikisaasaanirya eri empewo gyonagyona, ninsowola ekitala ekiribasengererya.13Obusungu bwange bwe bulituukirira butyo, era ndiikutya ekiruyi kyange ku ibo, kale ndisanyusibwa: kale balimanya nga ninze Mukama ntumwire olw'obunyiikivu bwange, bwe ndimala okutuukiririrya ku ibo ekiruyi kyange. 14Era ate ndikufuula amatongo n'ekivumi mu mawanga gonagona agakwetooloire, abo bonabona ababitawo nga babona.15Awo kiribba kivumi n'ekikiinu ekiyigirwaku era ekisamaalirirwa eri amawanga agakwetooloire, bwe ndituukiririrya emisango mu iwe nga ndiku obusungu n'ekiruyi, era nga nenya n'ekiruyi: nze Mukama nkitumwire 16bwe ndibaweereryaku obusaale obubbiibi obw'enjala obw'okuzikirirya bwe ndiweererya okubazikirirya: era ndyongerya ku imwe enjala, era ndimenya omwigo gwanyu ogw'omugaati; 17era ndibaweereryaku enjala n'ensolo embiibbi, era girikufiirirya; era kawumpuli n'omusaayi biribita mu iwe; era ndikuleetaku ekitala: nze Mukama ntumwiire.
1Era ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Omwana w'omuntu, oikye amaiso go eri ensozi gya Isiraeri, ogiragule, otumule nti 3Imwe ensozi gya Isiraeri muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: ati Mukama Katonda bw'akoba ensozi n'obusozi, emiiga n'ebiwonvu, nti Bona, nze, ninze mwene, ndibaleetaku ekitala, edi ndizikirirya ebifo byanyu ebigulumivu.4N'ebyoto byanyu birirekebwawo, n'ebifaananyi byanyu eby'eisana birimenyeka: edi ndisuula abasaiza banyu abaitiibwe mu maiso g'ebifaananyi byanyu. 5Era ndigalamirya emirambo gy'abaana ba Isiraeri mu maiso g'ebifaananyi byabwe, era ndisaansaania amagumba ganyu okwetooloola ebyoto byanyu.6Mu bifo byonabyona mwe mubba ebibuga birizikibwa, n'ebifo ebigulumivu birirekebwawo: ebyoto byanyu bizikibwe era birekebwewo, n'ebifaananyi byanyu bimenyekere biweewo, n'ebifaananyi byanyu eby'eisana bitemerwe dala, n’emirimu gyanyu gitoolebwewo. 7Kale abaitibwa baligwa wakati mu imwe, era mulimanya nga nze ndi Mukama.8Era naye ndireka ekitundu ekifiikirewo, kubanga mulibba n'abamu abaliwona ekitala mu mawanga, bwe mulisaansaanyizibwa mu nsi nyingi. 9Kale abo abaliwona ku imwe balinjijukira nga beema mu mawanga gye balitwalibwa mu basibe, bwe namenyekere olw’omwoyo gwabwe omwenzi, oguviire ku nze, n'olw'amaiso gaabwe agayabire nga genda okusengererya ebifaananyi byabwe: kale balyetamwa mu maiso gaabwe ibo olw’obubbiibi bwe bakolere mu mizizo gyabwe gyonagyona. 10Era balimanya nga ninze Mukama: tinatumuliire bwereere nga ndibakola obubbiibi buno.11Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Kubba n'omukono gwo, era samba n'ekigere kyo, otumule nti woowe! olw'emizizyo gyonagyona emibbiibi egy'enyumba ya Isiraeri: kubanga baligwa n'ekitala n'enjala n'o kawumpuli. 12Ali ewala alifa kawumpuli; n'oyo ali okumpi aligwa n’ekitala; n'oyo asigalawo n’azingizibwa alifa enjala: ntyo bwe ndituukiririrya ekiruyi kyange ku ibo.13Mwena mulimanya nga nze ndi Mukama, abasaiza baabwe abaitiibwe bwe balibba mu bifaananyi byabwe okwetooloola ebyoto byabwe, ku buli lusozi oluwanvu, ku ntiiko gyonagyona egy'ensozi ne wansi wa buli musaale ogwera ne wansi wa buli mwera omuziyivu, ekifo mwe baweerangayo eivumbe eisa eri ebifaananyi byabwe byonabyona. 14Nzena ndibagololeraku omukono gwange ni ndekesyawo ensi ne ngizikya, okuva ku idungu e Dibula, okubuna enyumba gyabwe gyonagyona: kale balimanya nga nze ndi Mukama.
1Era ate ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Wena, omwana w'omuntu, Ati Mukama Katonda bw'akoba ensi ya Isiraeri nti enkonerero yeene etuukire ku nsonda eina egy'ensi.3Atyanu enkomerero ekutuukireku, nzena ndikuweererya ku busungu bwange, era ndikusalira omusango ng'amangira go bwe gali; era ndikuleetaku emizizyo gyo gyonagyona. 4So n'eriiso lyange teririkusonyiwa so tindikwatibwa kisa: naye ndikuleetaku amangira go, n'emizizyo gyo giribba mu iwe wakati: kale mulimanya nga ninze Mukama.5Ati bw'aumula Mukama Katonda nti Akabbiibi, akabbiibi kamu: bona, kaiza. 6Enkomerero etuukire, enkomerero yeene etuukire, ezuuka eri iwe: bona, eiza. 7Omusango gwo gutuukire gy'oli, ai iwe atyama mu nsi: ekiseera kituukire, olunaku luli kumpi; olunaku olw'okusasamaliramu so ti lw'o kutumuliramu waigulu n'eisanyu, ku nsozi.8Atyanu natera okufukira dala ekiruyi kyange ku iwe, ne ntuukirirya obusungu bwange eri iwe, ne nkusalira omusango ng'amangira go bwe gali; era ndikuleetaku emizizyo gyo gyonagyona. 9So n'eriiso lyange teririsonyiwa so tindikwatibwa kisa: ndikuleetaku ng'amangira go bwe gali, n'emizizyo gyo giribba mu niiwe wakati; kale mulimanya nga ninze Mukama nkubba.10Bona, olunaku, bona, lwiza: omusango gwo gufulumire; omwigo gwanyizirye, amalala gamulikirye. 11Ekyeju kigolokokere okubba omwigo ogw'obubbiibi; tiwalibba ku ibo abalisigalawo, waire olufulube lwabwe waire obugaiga bwabwe: so tewalibba bukulu mu ibo.12Ekiseera kituukire, olunaku lusembeire kumpi: agula aleke okusanyuka, so n'atunda aleke okunakuwala: kubanga obusungu buli ku lufulube lwabwe lwonalwona. 13Kubanga atunda taliira eri ekyo ekitundibwa, waire nga bakaali balamu: kubanga okwolesebwa kw'o lufulube lwabwe lwonalwona, tiwalibba aliira; so tewalibba alyenywezya mu butali butuukirivu obw'obulamu bwe.14Bafuuwe eikondeere bategekere byonabyona; naye wabula ayaba mu lutalo: kubanga obusungu bwange buli ku lufulube lwabwe lwonalwona. 15Ekitala kiri wanza, n'o kawumpuli n'enjala biri munda: ali mu nimiro alifa n'ekitala; n'oyo ali mu kibuga enjala n'o kawumpuli birimulya. 16Naye abo abaliwonawo ku ibo baliwona, era balibba ku nsozi nga bukaamukuukulu obw'omu biwonvu, bonabona nga bawuubaala, buli muntu mu butali butuukirivu bwe.17Emikono gyonagyona giriyongobera, n'amakumbo gonagona galibba manafu ng'amaizi. 18Era balyesiba ebinyakinyaki, n'ensisi eribabiikaku; n'ensoni giribba ku maiso gonagona, n'emitwe gyabwe gyonagyona giribaaku empaata. 19Balisuula efeeza yaabwe mu nguudo, ne zaabu yaabwe eribba ng'ekintu ekitali kirongoofu; efeeza yaabwe ne zaabu yaabwe tebirisobola kubawonya ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama; tebalyeikutya meeme gyabwe, so tebalyejusya bida byabwe: kubanga ebyo niibyo byabbanga enkonge ey'obutali butuukirivu bwabwe.20Obusa obw'obuyonjo bwe yabusimbire mu bukulu: naye ne bakolera ebifaananyi eby'emizizyo gyabwe n'ebintu byabwe eby'ebiive omwo: kyenviire mbifuula gye bali ng'ekintu ekitali kirongoofu. 21Era ndibuwaayo mu mikono gya banaigwanga okubba omunyago, n'eri ababbiibi ab'omu nsi okubba eky'okugereka; era balibwonoona. 22Era ndikyusya n'amaiso gange okugabatoolaku, era ibo balyonoona ekifo kyange eky'ekyama: era abanyagi balikiyingiramu ne bakyonoona.23Kola olujegere: kubanga ensi eizwire emisango egy'omusaayi, era ekibuga kiizwire ekyeju. 24Kyendiva ndeeta banaigwanga abasinga obubbiibi, ne balya enyumba gyabwe: era ndikomya amalala ag'ab'amaani; n'ebifo byabwe ebitukuvu biryonoonebwa. 25Okuzikirira kwiza; era balisagira emirembe, kale nga wabula.26Waliiza akabbiibi ku kabbiibi, era waliwulirwa ebigambo ku bigambo; era balisagira okwolesebwa eri nabbi; naye amateeka galigota awali kabona, n'okuteesya awali abakaire. 27Kabaka aliwuubaala, n'omukungu alivaala obwinike, n'emikono gy'abantu ab'omu nsi giryeraliikirira: ndibakola ng'engira yabwe bweri, era nga bwe basaaniire bwe ndibasalira omusango; kale balimanya nga ninze Mukama.
1Awo olwatuukire mu mwaka ogw'omukaaga mu mwezi ogw'omukaaga ku lunaku oIw'okutaanu olw'omwezi, bwe nabbaire nga ntyaime mu nyumba yange n'abakaire ba Yuda nga batyaime mu maiso gange, omukono gwa Mukama Katonda ne gugwira eyo ku nze. 2Awo ne moga, era, bona, ekifaananyi ekyabbaire ng'embala ey'omusyo; okuva ku mbala ey'enkende ne wansi, musyo: n'okuva ku nkende yakyo n'okwambuka, ng'embala ey'okumasamasa, ng'eibala lye zaabu etabwirwemu efeeza.3Awo n'agolola ekyabbaire ng'omukono n'ankwata ku muvumbo gw'enziiri egy'oku mutwe gwange; omwoyo ne gunsitula wakati w'ensi n'eigulu ne guntwala e Yerusaalemi mu kwolesebwa kwa Katonda, eri olwigi olw'omulyango ogw'oluya olw'omunda, ogulingiriira obukiika obugooda; awali entebe ey'ekifaananyi eky'eiyali ekireeta eiyali. 4Awo, bona, ekitiibwa kya Katonda wa Isireaeri kyabbaire eyo ng'embala bwe yabbaire gye naboneire mu lusenyu.5Awo n'ankoba nti Omwana w'omuntu, yimusya amaiso go atyanu eri engira eyaba obukiika obugooda. Awo ne nyimusya amaiso gange eri engira eyaba obukiika obugooda, kale, bona, ekifaananyi kino eky'eiyali nga kiri mu mulyango ku luuyi olw'obukiika obugooda olw'omulyango ogw'ekyoto. 6Awo n'ankoba nti Omwana w'omuntu, obona kye bakola? obona emizizyo emikulu enyumba ya Isiraeri gye bakoleire wano, kaisi neesambe wala awatukuvu wange? naye wabona ate n'emizizyo egindi emikulu.7Awo n'andeeta ku lwigi olw'eiyali; awo bwe nalingire, bona, ekituli nga kiri mu kisenge. 8Awo n'ankoba nti mwana w'o muntu, sima mu kisenge awo bwe namalire okusima mu kisenge, bona, olwigi. 9N'ankoba nti Yingira obone emizizyo egy'obubbiibi gye bakolera wano.10Awo ne nyingira ne mbona; era, bona, buli ngeri ey'ebyewalula n'ensolo egy'e mizizyo n'ebifaananyi byonabyona eby'enyumba ya Isiraeri nga bitoneibwe ku kisenge enjuyi gyonagyona. 11Era nga weemereire mu maiso gaabyo Abasaiza nsanvu ku bakaire ab'omu nyumba ya Isiraeri, ne wakati mu ibo nga mwemereire Yaazaniya mutaane wa Safani, buli muntu ng'akwaite ekyotereryo kye mu mukono gwe; akaloosa ak'ekireri eky'obubaani ne kanyooka.12Awo n'ankoba nti mwana w'omuntu, oboine abakaire ab'omu nyumba ya Isiraeri kye bakolere mu ndikirirya, buli muntu mu bisenge bye ebirimu ebifaananyi? kubanga batumula nti Mukama tatubona; Mukama yalekere ensi. 13Era n'ankoba nti Era wabona ate n'emizizyo egindi emikulu gye bakola.14Awo n'andeeta eri olwigi olw'omulyango ogw'enyumba ya Mukama ogwayolekeire obukiika obugooda; awo, bona, abakali nga batyaime eyo nga bakungira Tamuzi. 15Awo n'ankoba nti oboine, omwana w'omuntu? era wabona ate emizizyo egisinga gino obukulu.16Awo n'andeeta mu luya olw'omunda olw'enyumba ya Mukama, kale, bona, ku lwigi olwe yeekaalu ya Mukama wakati w'ekisasi n'ekyoto nga waliwo abasaiza ng'abiri na bataanu, abakubbire enkoone yeekaalu ya Mukama n'amaiso gaabwe nga galingirira ebuvaisana; era nga basinza eisana nga balingirira ebuvaisana.17Awo n'ankoba nti oboine, omwana w'omuntu? kigambo kyangu eri enyumba ya Yuda nga bakola emizizyo gye bakolera wano? kubanga baizwiirye ensi ekyeju, era bakyukire ate okunsunguwalya: era, bona, basemberya eitabi ku nyindo yaabwe. 18Era nzena kyendiva nkola n'ekiruyi: eriiso lyange teririsonyiwa so tindikwatibwa kisa: era waire nga bakunga n'eidoboozi inene mu matu gange, tindibawulira.
1Awo n'atumulira waigulu n'eidoboozi inene mu matu gange ng'atumula nti Semberya abo abakulira ekibuga, buli muntu ng'akwaite ekyokulwanisya kye ekizikirirya mu mukono gwe. 2Kale, bona, abasaiza mukaaga ne baiza nga bafuluma mu ngira ey'omulyango ogw'engulu ogwolekera obukiika obugooda, buli muntu ng'akwaite ekyokulwanisya kye ekiita mu mukono gwe; n'omusaiza omumu wakati mu ibo avaire bafuta ng'alina ekikompe ky'o bwino eky'omuwandiiki mu nkende. Ne bayingira ne bemerera ku mbali kw'ekyoto eky'ekikomo.3Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyabbaire kiniinire okuva ku kerubi kwe kyabbaire okutuuka ku mulyango ogw'enyumba: n'ayeta omusaiza ayavaire bafuta eyabbaire n'ekikompe kya bwino eky'omuwandiiki mu nkende. 4Awo Mukama n'amukoba nti yaba obite wakati mu kibuga, wakati mu Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byeni by'abantu abaweera ebiikowe era abakungira emizizyo gyonagyona egikolerwa wakati mu ikyo.5N'abandi n'abakoba nze nga mpulira nti imwe mubite mu kibuga nga mumuvaaku enyuma musumite: eriiso lyanyu lireke okusonyiwa so timubbanga ne kisa: 6mwitiire dala omukaire n'omwisuka n'omuwala n'abaana abatobato n'abakali: naye timusembereranga muntu yenayena aliku akabonero era musookere ku watukuvu wange. Awo ne basookera ku bakaire ababbaire mu maiso g'enyumba7N'abakoba nti enyumba mugyonoone, mwizulye empya abaitiibwe: mufulume. Awo ni bafuluma ne basumitira mu kibuga. 8Awo olwatuukukire bwe babbaire nga basumita nzena nga tinjigairewo, ni vuunama amaiso gange ni nkunga ni ntumula nti Woowe, Mukama Katonda! wazikirirya Isiraeri yenayena afiikirewo, ng'ofukira dala ekiruyi kye ku Yerusaalemi?9Awo n'ankoba nti obutali butuukirivu bw'enyumba ya Isiraeri ne Yuda bungi inu nyini, n'ensi eizwire omusaayi, n'ekibuga kizwire okulya ensonga: kubanga batumula nti Mukama yalekere ensi, so Mukama tabona. 10Era nzena eriiso lyange tiririsonyiwa so tindisaasira, naye ndireeta engira yabwe ku mutwe gwabwe. 11Kale, bona, Omusaiza avaire bafuta eyabbaire n'ekikompe ekya bwino mu nkende n'airya ebigambo ng'atumula nti nkolere nga bw'ondagiire.
1Awo ni moga, era, bona, mu ibbanga eryabbaire waigulu w'omutwe gwa bakerubi ne waboneka waigulu wabwe ng'eibbaale erya safiro ng'embala ey'ekifaananyi eky'entebe. 2N'ankoba omusaiza avaire bafuta n'atumula nti Yingira wakati w'empanka egyetooloola abawulukuka, wansi we kerubi, oizulye ebibatu byo byombiri ebisiriirya eby'omusyo ebiva wakati wa bakerubi, obimansire ku kibuga. Awo n'ayingira nze nga mbona.3Era bakerubi babbaire bemereire ku luuyi olw'enyumba olulyo omusaiza bwe yayingiire; ekireri ne kizulya oluya olw'omunda. 4Ekitiibwa kya Mukama ne kiniina okuva ku kerubi, ne kyemerera waigulu ku mulyango ogw'enyumba; enyumba n'eizula ekireri, oluya ne lwizulya okumasamasa okw'ekitiibwa kya Mukama. 5N'okuwuuma kw'ebiwawa bya kerubi ne kuwulirwa okutuuka n'o mu luya olw'ewanza, ng'eidoboozi lya Katonda omuyinza w'ebintu byonabyona bw'atumula.6Awo olwatuukire bwe yalagiire omusaiza avaire bafuta ng'atumula nti toola omusyo wakati we mpanka egyetooloola abavulukuka wakati wa bakerubi, n'ayingira n'ayemerera ku mbali kwe mpanka. 7Awo kerubi n'agolola omukono gwe ng'ayema wakati wa bakerubi eri omusyo ogwabbaire wakati wa bakerubi n'atwalaku, n'aguteeka mu mikono gy'oyo avaire bafuta, oyo n'agutoola n'afuluma. 8Awo ne waboneka mu bakerubi embala ey'omukono gw'omuntu wansi w'ebiwawa byabwe.9Awo ne ntyama, era, bona, empanka ina nga giri ku mbali ga bakerubi, olupanka lumu ng'aluli ku mbali kwa kerubi mumu, n'o namuziga ogondi ng'ali ku mbali kwa kerubi ogondi: n'embala eyo lupanka yabbaire ng'eibala ery'eibbaale erya berulo. 10N'embala yaabwe, abo abana babbaire n'ekifaananyi kimu, kwekankana olupanka ng'aluli munda w'o lupanka. 11Bwe baatambulanga, ne batambulira ku mpete gyabwe eina: tebaakyukire bwe batambwire, naye mu kifo omutwe gye gwalinganga, ne bagusengereryanga tebaakyukire bwe baatambwire.12N'omubiri gwabwe gwonagwona n'amabega gabwe n'emikono gyabwe n'ebiwawa byabwe ne mpanka byabbaire bizwire amaiso enjuyi gyonagyona, empanka egyo eina niigyo gyabbaire. 13Empanka, bagyetere nze nga mpulira empanka gyetooloire abawulukuka. 14Era buli mumu yabbaire n'obweni buna: obweni obw'oluberyeberye bwabbaire bweni bwa kerubi, n'obweni obw'okubiri bwabbaire bweni bw'o muntu, n'obweni obw'okusatu bweni bw'e mpologoma, n'obw'okuna bweni bw'eikookooma.15Era bakerubi baniinire waigulu: ekyo niikyo ekiramu kye naboneire ku mbali kw'omwiga Kebali. 16Era bakerubi bwe batambulanga, empanka ne gitambulira ku mbali kwabwe: era bakerubi bwe bayimusyanga ebiwawa byabwe okuniina okuva ku Itakali, so ne mpanka tigyakyukanga okuva ku mbali kwabwe. 17Abo bwe bayemereranga, na bano ne bemerera; era ibo bwe baniinanga waigulu, ne bano ne baniinira wamu nabo: kubanga omwoyo gw'ekiramu gwabbaire mu ibo.18Awo ekitiibwa kya Mukama ne kifuluma okuva waigulu ku mulyango gw'enyumba ne kyemerera waigulu wa bakerubi. 19Era bakerubi bayimusya ebiwawa byabwe ne baniina okuva ku itakali nze nga mbona bwe baafuluma, ne mpanka ku mbali kwabwe: era beemereire ku lwigi olw'omulyango ogw'ebuvaisana ogw'enyumba ya Mukama; era ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyabbaire ku ibo waigulu.20Ekyo niikyo kiramu kye naboina wansi wa Katonda wa Isiraeri ku mbali k'omwiga Kebali; ne manya nga niibo bakerubi. 21Buli mumu yabbaire n'obweni buna mumu ku mumu, era buli mumu ebiwawa bina; n'ekifaananyi eky'emikono gy'omuntu kyabbaire wansi w'ebiwawa byabwe. 22Era ekifaananyi eky'obweni bwabwe, bwe bwabbaire obweni bwe naboneire ku mbali kw'omwiga Kebali, embala gyabwe bona beene; bonabona batambulanga nga beesimba.Ezekyeri
1Era ate omwoyo ne gunsitula ne guntwala eri omulyango ogw'ebuvaisana ogw'enyumba ya Mukama ogulingirira ebuvaisana: kale, bona, ku lwigi olw'omulyango nga kuliku abasaiza abiri na bataanu; ne mbona wakati mu ibo Yaazaniya mutaane wa Azuli n'o Peratiya mutaane wa Benaya, abakungu ab'omu bantu.2N'ankoba nti mwana w'omuntu, bano niibo basaiza abagunja obutali butuukirivu, era abawa okuteesya okubbiibi mu kibuga kino: 3abatumula nti Ekiseera tekiri kumpi okuzimba enyumba: ekibuga kino niiyo ntamu, feena nyama. 4Kale obalagulireku, lagula, ai omwana w'omuntu.5Awo omwoyo gwa Mukama ne gungwaku, n'ankoba nti tumula nti ati bw'atumula Mukama nti mutyo bwe mutumwire, ai enyumba ya Isiraeri; kubanga maite ebigambo ebiyingira mu mwoyo gwanyu. 6Mwairirye abanyu abaitiibwe mu kibuga kino, era mwizwirye enguudo gyakyo abo abaitiibwe. 7Mukama Katonda kyava atumula ati nti Abanyu abaitibwe niibo be muteekere wakati mu ikyo, abo niiyo enyama, n'ekibuga niiyo entamu: naye imwe mulitoolebwa wakati mu ikyo.8Mutiire ekitala; nzena ndibaleetaku ekitala, bw'atumula Mukama Katonda. 9Era ndibatoola wakati mu ikyo, ne mbawaayo mu mikono gya banaigwanga, era ndituukirirya mu imwe emisango. 10Muligwa n'ekitala; ndibasalira omusango mu nsalo ya Isiraeri; kale mulimanya nga ninze Mukama.1112Ekibuga kino ti niikyo kiribba entamu yanyu, so mwena ti niimwe mulibba enyama wakati mu ikyo; ndibasalira omusango mu nsalo ya Isiraeri;13Awo olwatuukire bwe nalagwire, Peratiya mutaane wa Benaya n'afa. Awo ne nvuunama amaiso gange, ne nkunga n'eidoboozi inene ne ntumula nti woowe, Mukama Katonda! wamalirawo dala ekitundu kya Isiraeri ekifiikirewo?14Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 15Mwana w'o muntu, bagande bo, abasaiza ab'ekika kyanyu, n'enyumba yonayona eya Isiraeri, bonabona, niibo abo abakobeibwe abo abali mu Yerusaalemi nti Mwesambe wala Mukama: Ife ensi eno etuweereirwe okubba obutaka:16kale tumula nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti kubanga nabaijuluire ni mbatwala wala mu mawanga, era kubanga mbasaansaanirye mu nsi nyingi era naye ndibba gye bali ekifo ekitukuvu ekiseera ekitono mu nsi gye batuukire. 17Kale tumula nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti ndibakuŋaanya okubatoola mu mawanga, ne mbayoola okubatoola mu nsi mwe mwasaansaanyiziibwe, era ndibawa ensi ya Isiraeri. 18Kale baliizayo, ne batoolawo ebintu byayo byonabyona eby'ebiive n'emizizyo gyayo gyonagyona ne bagimalayo.19Era ndibawa omwoyo gumu, era nditeeka omwoyo omuyaka mu imwe; era nditoola omwoyo ogw'eibbaale mu mwoyo gwabwe, ne mbawa omwoyo ogw'enyama: 20Kaisi batambulirenga mu mateeka gange ne bakwata ebyo bye nateekerewo ne babikola: era babbanga bantu bange, nzena nabbanga Katonda waabwe. 21Naye abo, omwoyo gwabwe gutambula okusengererya omwoyo ogw'ebintu byabwe eby'ebiive n'emizizyo gyabwe, ndireeta engira yabwe ku mitwe gyabwe ibo, bw'atumula Mukama Katonda.22Awo bakerubi kaisi ne bayimusya ebiwawa byabwe, ne mpanka nga bali ku mbali kwabwe; n'ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri kyabbaire ku ibo waigulu. 23N'ekitiibwa kya Mukama ne kiniina okuva wakati mu kibuga, ni kyemerera ku lusozi oluli ku luuyi lw'ekibuga olw'ebuvaisana.24Omwoyo ne gunsitula ne guntwalira mu kwolesebwa olw'omwoyo gwa Katonda e Bukaludaaya eri ab'obusibe. Awo okwolesebwa kwe nabbaire mboine ne kuniina okunvaaku. 25Awo ne ntumula n'ab'obusibe ebigambo byonabyona Mukama bye yabbaire andagire.
1Era ekigambo kya Mukama kyangiziire nga kitumula nti 2Mwana w'omuntu, obba wakati mu nyumba eyo enjeemu abalina amaiso ag'okubona so tibabona, abalina amatu ag'okuwulira so tebawulira; kubanga nyumba njeemu.3Kale, iwe mwana w'omuntu, weetegekere ebintu eby'obuwaŋangusi, ositule okusenguka misana ibo nga babona; era olisenguka mu kifo kyo n'oira mu kifo ekindi ibo nga babona: koizi balirowooza, waire nga nyumba njeemu.4Era olitoolamu ebintu misana ibo nga babona, ng'ebintu eby'obuwaŋangusi: era olivaamu wenka olweigulo ibo nga babona, ng'abantu bwe baviiremu ababbingiibwe ewaabwe. 5Sima ekisenge ibo nga babona, obityemu ebintu. 6Bisitulire ku kibega kyo ibo nga babona, obifulumye endikirirya nga ekwaite; olibiika ku maiso go oleke okubona eitakali: kubanga nkutekerewo okubba akabonero eri enyumba ya Isiraeri.7Awo ni nkola ntyo nga bwe nalagiirwe: natoiremu ebintu byange misana ng'ebintu eby'obuwaŋangusi, olweigulo ne nsima ekisenge n'omukono gwange; ni mbitoolamu endikirirya nga ekwaite, ne mbisitulira ku kibega kyange ibo nga babona.8Awo amakeeri ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 9Mwana w'o muntu, enyumba ya Isiraeri, nyumba enjeemu, tebakukobere nti okola ki? 10Bakobe nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti omugugu guno gwo mulangira w'o mu Yerusaalemi n'enyumba yonayona eya Isiraeri niibo balimu.11Tumula nti nze ndi kabonero kanyu: nga bwe nkolere, batyo bwe balikolwa: balibbingibwa ewaabwe okwaba mu busibe. 12N'omulangira ali mu ibo alisitulira ku kibega kye endikirirya nga ekwaite n'afuluma; balisima mu kisenge okubityamu ebintu okubifulumya: alibiika ku maiso ge, kubanga taribona itakali n'amaiso ge. 13Era ndimusuulaku ekitimba kyange, era aliteegebwa mu kyambika kyange: era ndimutwala e Babulooni mu nsi ey'Abakaludaaya: era naye talikibona, waire ng'alifiira eyo.14Era ndisaansaanirya eri empewo gyonagyona abo bonabona abamwetooloire okumubbeera n'ebibiina bye byonabyona; era ndisowola ekitala ekiribasengererya. 15Kale balimanya nga ninze Mukama, bwe ndibasaansaanirya mu mawanga ne mbataataaganyirya mu nsi nyingi. 16Naye ndirekawo ku ibo Abasaiza batono abaliwona ekitala n'enjala n'o kawumpuli; kaisi babulirenga emizizyo gyabwe gyonagyona mu mawanga gye balituuka; kale balimanya nga ninze Mukama.17Era ate ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 18Omwana w'omuntu, lya emere yo ng'otengera, onywe amaizi ng'ojugumira era nga weraliikirira; okobe abantu ab'omu nsi, nti19Ati bw'atumula Mukama Katonda ku abo abali mu Yerusaalemi n'e nsi ya Isiraeri nti balirya emere yaabwe nga beeraliikirira, era balinywa amaizi gaabwe nga basamaalirira, ensi yaakyo erekeibwewo byonabyona ebirimu olw'ekyeju ky'abo bonabona abatyamamu. 20N'ebibuga ebibbeerwamu birizikibwa, n'e nsi eribba matongo; kale mulimanya nga ninze Mukama.21Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 22Mwana w'omuntu, lugero ki luno lwe mulina mu nsi ya Isiraeri, nga mutumula nti enaku gibitirira, era buli kwolesebwa kugota? 23Kale bakobe nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti ndikomya olugero olwo, so tebalirugera ate mu Isiraeri okubba olugero; naye bakobe nti enaku giri kumpi okutuuka, n'okutuukirirya buli kwolesebwa.24Kubanga tewalibbaawo ate kwolesebwa okw'obwereere waire obulaguzi obunyumirirya mu nyumba ya Isiraeri. 25Kubanga ninze Mukama; nditumula n'ekigambo kye nditumula kirituukirizibwa; tikirirwisibwa ate; kubanga mu naku gyanyu, ai enyumba enjeemu, mwe nditumulira ekigambo, era ndikituukirirya, bw'atumula Mukama Katonda.26Ate ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 27Mwana w'omuntu, bona, ab'omu nyumba ya Isiraeri batumula nti Okwolesebwa kw'obona kw'omu naku nyingi egikaali kwiza, era alagula eby'ebiseera ebikaali ewala. 28Kale bakobe nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Tewalibba ku bigambo byange ebirirwisibwa ate, naye ekigambo kye nditumula kirituukirizibwa, bw'atumula Mukama Katonda.
1Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Mwana w'o muntu, lagulira ki banabbi ba Isiraeri abalagula obakobe abo abalagula ebiva mu mwoyo gwabwe ibo, nti Muwulire ekigambo kya Mukama; 3Ati bw'atumula Mukama Katonda nti gibasangire banabbi abasirusiru abasengererya omwoyo gwabwe ibo, so nga babulaku kye baboine! 4Ai Isiaeri, banabbi bo baabbanga ng'ebibbe mu bifo ebyalekeibwewo.5Timwambukanga mu bituli ebyawagwirwe, so temwidaabiririryanga nyumba ya Isiraeri olukomera, mwemerere mu lutalo ku lunaku lwa Mukama. 6Baboine ebibulamu n’obulaguli obw'obubbeeyi abo abatumula nti Mukama atumula; so nga Mukama tabatumire: era basuubizirye abantu ng'ekigambo kyaaba kunywezebwa. 7Timuboine kwolesebwa okubulamu, era timutumwire bulaguli bwo bubbeeyi, kubanga mutumula nti Mukama atumula: era naye tintumulanga?8Mukama Katonda kyava atumula nti kubanga mutumwire ebibulamu, era muboine eby'obubbeeyi, kale, bona, ndi mulabe wanyu, bw'atumula Mukama Katonda. 9Era omukono gwange gulibba mulabe wa banabbi ababona ebibulamu ni balagula eby'obubbeeyi: tibalibba mu abo abateesya ab'omu bantu bange, so tibaliwandiikibwa nu kiwandiike eky'enyumba ya Isiraeri, so tebaliyingira mu nsi ya Isiraeri; kale mulimanya nga ninze Mukama Katonda.10Kubanga, niiwo awo, kubanga basengeresengere abantu bange, nga batumula nti mirembe; so nga wabula mirembe; era omuntu bw'azimba ekisenge, bona, bakisiigaku eibbumba eritasekwirwe okusa: 11bakobe abo abakisiigaku ebubbeyi eritasekwirwe kusa nga kirigwa: walibbaawo maizi agakulukuta einu; mwena, amabbaale ag'omuzira amanene, muligwa; ne mpunga enyingi alikimenya. 12erikimenya, ekisenge bwe kiribba nga kigwire, timulikobebwa nti okusiigaku kwe mwakisiigireku kuli waina?13Kale Ati bw'atumula Mukama Katonda nti ndikimenyera dala ne mpunga nyingi nga ndiku ekiruyi; era walibbaawo amaizi agakulukuta einu nga ndiku obusungu, n'amabbaale ag'omuzira amanene okukimalawo. 14Ntyo bwe ndyabirya dala ekisenge kye mwasiigireku eibbumba eritasekuliibwe kusa, ni nkiteeka wansi, omusingi gwakyo n'okweruka ni gweruka: era kiriwa, naimwe mulimalibwawo wakati mu ikyo: kale mulimanya nga ninze Mukama.15Ntyo bwe ndituukirirya ekiruyi kyange ku kisenge n'o ku abo abakisiigireku eibbumba eritasekuliibwe kusa; era ndibakoba nti ekisenge tikikali kiriwo waire abo abaakisiigireku; 16Niibo banabbi ba Isiraeri abalagula ebye Yerusaalemi era abakiboneire okwolesebwa okw'emirembe, so nga wabula mirembe, bw'atumula Mukama Katonda.17Wena, omwana w'omuntu, kakasya amaiso go okwolekera abawala b'abantu bo, abalagula ebiva mu mwoyo gwabwe ibo; era balagulireku 18otumule nti ati bw'atumula Mukama Katonda nti gibasangire abakali abatungira ebigugu ku nkokola gyonagyona, era abakolera ebiwero emitwe gy'abantu aba buli kigera okwega obulamu mulyega obulamu bw'abantu bange, ne muwonya mwenka obulamu bwanyu okufa?19Era mwanvumisirye mu bantu bange olw'engalo egya sayiri n'olw'ebitole eby'emigaati okwita obulamu obutagwana kufa, n'okuwonya obulamu okufa obutagwana kubba bulamu, nga mubbeya abantu bange abawulira eby'obubbeyi.20Mukama Katonda kyava atumula ati nti Bona, ndi mulabe we bigugu byanyu bye muyigisya obulamu eyo okububuukisya, era ndibisika okubitoola ku mikono gyanyu; era ndiita obulamu obwo bwe muyiiga okububuukisya. 21Era n'ebiwero byanyu ndibikanula, ni mponya abantu bange mu mukono gwanyu, so nga tibakaali babba mu mukono gwanyu okuyiigibwa; kale mulimanya nga ninze Mukama.22Kubanga muwuubairye n'eby'obubbeyi omwoyo gw'o mutuukirivu nze gwe ntawubaalyanga; ni munywezya emikono gy'omubbiibi, aleke okwira okuva mu ngira ye embiibbi n'awona nga mulamu: 23kyemuliva muleka okubona ate ebitalamu waire okulagula obulaguli: nzena ndiwonya abantu bange mu mukono gwanyu; kale mulimanya nga ninze Mukama.
1Awo abamu ku bakaire ba Isiraeri ni baiza gye ndi ne batyama mu maiso gange. 2Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 3Omwana w'omuntu, Abasaiza bano batwaire ebifaananyi byabwe mu mwoyo gwabwe, era batekere enkonge ey'obutali butuukirivu mu maiso gaabwe: nsobola ntya abo okumbuulya n'akamu konka?4Kale tumula nabo obakobe nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti buli muntu ow'omu nyumba ya Isiraeri atwala ebifaananyi bye mu mwoyo gwe, n'ateeka enkonge ey'obutali butuukirivu bwe mu maiso ge, n'aiza eri nabbi; nze Mukama ndimwiramu mu ebyo ng'olufulube lw'ebifaananyi bye bwe luli; 5kaisi nkwate enyumba ya Isiraeri omwoyo gwabwe ibo, kubanga bonabona baneeyawireku olw'ebifaananyi byabwe.6Kale bakobe enyumba ya Isiraeri nti ati bw'atumula Mukama Katonda nti mwire mukyuke okuleka ebifaananyi byanyu; era mukyuse amaiso ganyu okuleka emizizyo gyanyu gyonagyona.7Kubanga buli muntu ow'omu nyumba ya Isiraeri oba ow'o ku banaigwanga ababba mu Isiraeri eyeeyawula nanze n'atwala ebifaananyi bye mu mwoyo gwe n'ateeka enkonge ey'obutali butuukirivu bwe mu maiso ge n'aiza eri nabbi okuneebuulyaku; nze Mukama ndimwiramu nze mwene: 8era ndikakasya amaiso gange okwolekera omuntu oyo, era ndimufuula ekyewuunyo, okubba akabonero n'olugero, era ndimuzikirirya wakati mu bantu bange; kale mulimanya nga ninze Mukama.9Era oba nga nabbi alibbeyebwa n'atumula ekigambo, nze Mukama nga mbeyere nabbi oyo, era ndimugololeraku omukono gwange, ni muzikirirya wakati mu bantu bange Isiraeri. 10Era balyetiika obutali butuukirivu bwabwe: obutali butuukirivu bwa nabbi bulyekankanira dala obutali butuukirivu bw'oyo amwebuulyaku; 11enyumba ya Isiraeri ereke okuwaba ate okunvaaku waire okweyonoona ate n'okusobya kwabwe kwonakwona; naye babbenga abantu bange, nzena mbbenga Katonda wabwe, bw'atumula Mukama Katonda.12Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 13Omwana w'omuntu, ensi bwe nyonoona ng'esoberye, nzena ni ngigololeraku omukono gwange ni menya omwigo ogw'emigaati gyamu, ni ngiweereryaki enjala, ni ngimalamu abantu era n'ensolo; 14abo bonsatu, Nuuwa n'o Danyeri n'o Yobu, waire nga babbaire omwo, bandiwonyezeibwe emeeme gyabwe ibo gyonka olw'obutuukirivu bwabwe, bw'atumula Mukama Katonda.15Bwe ndibitya ensolo embiibbi mu nsi n'okugyonoona ne gigyonoona n'okuzika n'ezika, omuntu yenayena n'atasobola kubitamu olw'ensolo egyo; 16Abasaiza abo bonsatu waire nga baali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama, tibandiwonyerye batabne baabwe waire bawala baabwe; ibo bonka bandiwonyezeibwe, naye ensi erizika.17Oba bwe ndireeta ekitala ku nsi ni ntumula nti ekitala, bita mu nsi; n'okumalamu ni ngimalamu abantu n'ensolo; 18abo bonsatu waire nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama Katonda, tibaliwonya bataane baabwe waire bawala baabwe, naye ibo beene baliwonyezebwa bonka.19Oba bwe ndiweererya kawumpuli mu nsi eno, ne ngifukaku ekiruyi kyange mu musaayi, okugimalamu abantu n'ensolo: 20Nuuwa no Danyeri no Yobu waire nga bali omwo, nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama Katonda, tibaliwonya mutaane waabwe waire muwala waabwe; baliwonya emeeme gyabwe ibo gyonka olw'obutuukirivu bwabwe.21Kubanga ati bw'atumula Mukama Katonda nti Kale tibirisinga inu okubba bityo, bwe ndiweererya emisango gyange eina emizibu ku Yerusaalemi, ekitala n'enjala n'ensolo embiibbi n'o kawumpuli, okukimalamu abantu n'ensolo?22Era naye mulisigalamu ekitundu ekifiikirewo ekiritolebwamu ni kitwalibwa, abaana ab'obwisuka n'ab'obuwala: bona, balifuluma baliiza gye muli, mwenw mulibona engira yabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulisanyusibwa mu bubiibbi bwe ndeetere ku Yerusaalemi, olwa byonabona bye nkiretereku. 23Era balibasanyusya bwe mulibona engira yabwe n'ebikolwa byabwe: kale mulimanya nga tinabalangire bwereere okukola byonabona bye nakolere mu ikyo, bw'atumula Mukama Katonda.
1Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Mwana w'omuntu, omuzabbibu gusinga gutya omusaale gwonagwona, oba eitabi ery'ogumu ku misaale egy'omu kibira? 3Batoolangaku emisaale okukola omulimu gwonagwona? oba abantu batoolangaku ekikondo okuwanikaku ekintu kyonakyona? 4bona, bagusuula mu musyo okubba enku: omusyo gugwokyerye eruuyi n'eruuyi ne wakati waagwo wayiire; guliku kye gugasa olw'omulimu gwonagwona?5bona, bwe gwabbaire nga gukaali mulamba, tigwasaaniire mulimu gwonagwona: kale omusyo nga gugwokyerye nga guyiire gukaali gusaanira gutya omulimu gwonagwona? 6Kale Mukama Katonda kyava atumula ati nti ng'o muzabbibu mu misaale egy'o mu kibira, gwe mpaireyo eri omusyo okubba enku, ntyo bwe ndiwaayo abo abali mu Yerusaalemi.7Era ndikakasya amaiso gange okuboolekera; balifuluma mu musyo, naye omusyo gulibookya; kale mulimanya nga ninze Mukama, bwe ndikakasya amaiso gange okuboolekera. 8Era ndizikya ensi kubanga basoberye, bw'atumula Mukama Katonda.
1Ate ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Mwana w'o muntu, manyisya Yerusaalemi emizizyo gyakyo, 3otumule nti Ati Mukama Katonda bw'akoba Yerusaalemi nti okuzaalibwa kwo n'ekika kyo by'o mu nsi ey'omu Kanani; Omwamoli niiye yabbaire Itaawo, n'o mawo yabbaire Mukiiti.4Era eby'okuzaalibwa kwo ku lunaku kwe wazaaliirwe tiwasaliibwe kalera, so tewanabiiibwe n'a maizi okukutukuzibwa; tiwateekeibwemu munyu n'akatono, so tewabikiibweku n'akatono. 5Wabula liiso eryakusaasiire okukukola ku ebyo byonabyona, okukukwatirwa ekisa; naye n'osuulibwa mu itale ewanza kubanga wakyayiibwe iwe ku lunaku kwe wazaaliirwe.6Awo bwe nakubitireku ne nkubonanga weekulukuunyirye mu musaayi gwo, ne nkukoba nti waire ng'oli mu musaayi gwo, bba mulamu: niiwo awo, ni nkukoba nti waire ng'oli mu musaayi gwo, bba mulamu. 7Ni nkwalya ng'ekimuli eky'omu nimiro, ni weeyongera n'ofuuka mukulu, n'otuuka ku buyonjo obusa einu; amabeere go ni gamera, enziiri gyo ni gikula; era naye ng'oli bwereere nga tobiikiibweku.8Awo bwe nakubitireku ni nkulingirira, bona, ekiseera kyo nga niikyo kiseera eky'okutakibwamu; ni nkwaliiraku ekirenge kyange ni mbiika ku bwereere bwo: niiwo awo, ni nkulayirira, ni ndagaana naiwe endagaanu, bw'atumula Mukama Katonda, n'ofuuka wange.9Awo ni nkunaabya n'amaizi; niiwo awo, ni nkunaabiryaku dala omusaayi gwo, ni nkusiigaku amafuta. 10N'okuvaalisya ne nkuvaalisya omulimu ogw'eidalizi, ni nkunaanika engaito egy'amawu g'entukulu ni nkusiba olwebaagyo olwa bafuta ensa, ni nkubiikaku aliiri. 11Era ni nkunaanika eby'obuyonjo, ni nteeka ebikomo ku mikono gyo n'omukuufu mu ikoti ryo. 12Ne nteeka empeta ku nyindo yo, n'eby'omu matu mu matu go n'engule ensa ku mutwe gwo.13Bwe wayonjeibwe otyo n'e zaabu n'e feeza; n'ebivaalo byo byabbaire bye bafuta nsa ne aliiri n'omulimu ogw'eidalizi; walyanga obwita obusa n'omujenene gw'enjoki n'amafuta: n'obba musa inu dala, n'obona omukisa okutuusya mu bukulu obw'obwakabaka. 14Eiyangwe lyo ne lyatiikirira mu mawanga olw'obusa bwo; kubanga bwabbaire butuukiriire olw'obukulu bwange bwe nabbaire nkutaireku bw'atumula Mukama Katonda.15Naye iwe ni weesiga obusa bwo, ne weefuula omwenzi olw'eitutumu lyo, n'ofuka obukaba bwo ku buli muntu eyabitangawo; bwabbanga bubwe. 16Era watoire ku bivaalo byo, ne weekolera ebifo ebigulumivu ebyayonjeibwe n'amabala agatali gamu, n'oyendera ku ibyo: ebifaanana bityo tebiriiza so tebiribba bityo.17N'okwirira n'oirira eby'obuyonjo bwo ebisa eby'e zaabu yange ne by'e feeza yange bye nabbaire nkuwaire, ni weekolera ebifaananyi by'abantu, n'oyenda ku ibyo: 18n'oirira ebivaalo byo eby'e idalizi, n'obibiikaku n'oteeka amafuta gange n'o bubaani bwange mu maiso gaabyo. 19Era n'e mere yange gye nakuwaire, obwita obusa n'amafuta n'o mujenene gw'enjoki, bye nakuliisyanga, n'okuteeka n'obiteeka mu maiso gabyo okubba eivumbe eisa, ne bibba bityo, bw'atumula Mukama Katonda.20Era ate wairiiire abaana bo ab'obwisuka n'ab'obuwala, be wanzaaliire, abo n'obawaayo okubba sadaaka eri ibyo okuliibwa. Obwenzi bwo kyabbaire kigambo kitono, 21n'oikuta n'oita abaana bange, n'obawaayo ng'obabitya mu musyo eri byo? 22Era mu mizizo gyo gyonagyona n'o mu bwenzi bwo toijukiranga naku gyo butobuto bwo, bwe wabbaire obwereere nga tobiikiibweku, era nga weekulukuunya mu musaayi gwo.23Awo olutuuka obubbiibi bwo bwonabwona nga bumalire okubbaawo, (zikusangire, gikusangire! bw'atumula Mukama Katonda,) 24wezimbiire ekifo ekikulumbala ne weekolera ekifo ekigulumivu mu buli luguudo.25Ozimbire ekifo kyo ekigulumivu buli luguudo we lusibuka, era ofiire obusa bwo okubba eky'omuzizyo, era obikuliire ku bigere buli muyise n'oyongera ku bwenzi bwo. 26Era oyendere ku Bamisiri, baliraanwa bo, ab'omubiri omunene; n'otumula ku bwenzi bwo okunsunguwalya.27Kale, bona, nkugololeireku omukono gwange, era nkendeezerye emere yo eya buliijo, ni nkuwaayo eri okutaka kw'abo abakukyawa, abawala b'Abafirisuuti abakwatiibwe ensoni engira yo ey'obukaba. 28Era n'oyenda ku Basuuli, kubanga tiwasoboire kwikuta; niiwo awo, oyendere ku ibo, era naye tewanyiwire. 29Era ate wayongera ku bwenzi bwo mu nsi y'e Kanani okutuusya e Bukaludaaya; era naye n'obwo tebwakunyiyirye.30Omwoyo gwo nga munafu! bw'atumula Mukama Katonda, kubanga okola bino byonabyona, omulimu ogw'omukali ow'amawaagali omwenzi; 31kubanga ozimba ebifo byo ebikulumbala buli luguudo we lusibuka, n'okola ekifo kyo ekigulumivu mu buli luguudo; so tobbanga nga mukali mwenzi kubanga onyooma empeera.32Omukali alina ibaaye ayenda so! aikirirya abageni mu kifo kya ibaaye so! 33Abakali bonabona abenzi babawa ebirabo: naye iwe owa ebirabo byo baganzi bo bonabona, n'obagulirira baize gy'oli okuva mu njuyi gyonagyona olw'obwenzi bwo. 34Era osoberye ensobya ibiri abakali abandi mu bwenzi bwo, kubanga wabula akusengererya iwe okwenda: era kubanga ogulirira so toweebwa mpeera kyova osobya ensobya eibiri.35Kale, ai omwenzi, wulira ekigambo kya Mukama: 36ati bw'atumula Mukama Katonda nti Kubanga empitambiibbi yo yafukiirwe dala, n'obwereere bwo ne bubiikulwaku olw'obwenzi bwo bwe wayendere ku baganzi bo; era olw'ebifaananyi byonabyona eby'emizizyo gyo n'olw'omusaayi gw'abaana bo gwe wabawaire; 37kale, bona, ndikuŋaanya baganzi bo bonabona be wasanyukire nabo, n'abo bonabona be watakire, wamu n'abo bonabona be wakyawire; okukuŋaanya ndibakuŋaanya okulwana naiwe enjuyi gyonagyona, era ndibabiikulira obwereere bwo, bonabona babone obwereere bwo.38Era ndikusalira omusango ng'abakali abaita obufumbo ne bayiwa omusaayi bwe basalirwa omusango; era ndikuleetaku omusaayi ogw'ekiruyi n'obukyayi. 39Era ndikuwaayo mu mukono gwabwe, kale balisuula ekifo kyo ekikulumbala ne bamenyaamenya ebifo byo ebigulumivu; era balikwambula ebivaalo byo, ne banyaga eby'obuyonjo bwo ebisa: kale balikuleka ng'oli bwereere ng'obikwirweku.40Era balikuniinisyaku ekibiina, ne bakukubba Amabbaale, ne bakusumitira dala n'ebitala byabwe. 41Era balyokya enyumba gyo omusyo ne batuukirirya emisango ku iwe abakali bangi nga babona; era ndikulekesyaayo obwenzi, so toliwaayo mpeera ate lwo kubiri. 42ntyo bwe ndiikutya ekiruyi kyange ku iwe, n'eiyali lyange bulikuvaaku, ne ntereera ne ntabbaaku busungu ate.43Kubanga toijukiranga naku gyo butobuto bwo, naye n'onyiiza mu bino byonabyona; kale, bona, nzena ndireeta engira yo ku mutwe gwo, bw'atumula Mukama Katonda: so tolyongera bukaba obwo ku mizizyo gyo gyonagyona.44Bona, buli muntu agera engero yakugereranga olugero luno ng'atumula nti bga maye n'o muwala we atyo. 45Oli muwala wa mawo atamwa ibaaye n'abaana be; era oli wo luganda na bagande bo abatamwa ba ibawabwe: mawanyu yabbaire Mukiiti, n'o itawanyu yabbaire Mwamoli.46No mukulu wo niiye Samaliya abba ku mukono gwo omugooda, iye na bawala be: n'o mwana wanyu atyama ku mukono gwo omulyo niiye Sodomu na bawala be.47Era naye totambuliranga mu mangira gabwe, so tokolanga ng'emizizyo gyabwe bwe giri; naye ekyo ng'okyeta kigambo kitono inu, n'osinga ibo okubba omukyamu mu mangira go gonagona. 48Nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama Katonda, mugande wo Sodomu takolanga, iye waire bawala be, nga iwe bw'okolere, iwe na bawala bo.49bona, buno niibwo bwabbaire obutali butuukirivu bwa mugande wo Sodomu; amalala n'okwikutanga emere n'okwesiima nga yeegolola byabbaire mu niiye n'o mu bawala be; so tiyanywezerye mukono gwo mwavu n'eyeetaaga. 50Era baalina ekitigi, ne bakola eby'emizizyo mu maiso gange: kyenaviire mbatoolawo nga bwe nasiimire.51So ne Samaliya takolanga kitundu kyo ku bibbiibi byo; naye iwe wayongeira ku mizizyo gyo okusinga ibo, n'oweesya obutuukirivu bagande bo olw'emizizyo gyo gyonagyona gye wakolere. 52Era wena bbaaku ensoni gyo iwe, kubanga osalire omusango bagande bo okusinga; olw'ebibbiibi byo bye wakolere eby'emizizyo okusinga ibo kyebaviire bakusinga obutuukirivu: niiwo awo, era swala obbeeku ensoni gyo kubanga oweeserye bagande bo obutuukirivu.53Era ndiiryawo obusibe bwabwe, obusibe bw'e Sodomu na bawala be, n'o busibe bwe Samaliya n'a bawala be, n'o busibe bw'abasibe bo abali wakati mu ibo: 54kaisi obbeeku ensoni gyo iwe, era okwatibwe ensoni olw'ebyo byonabyona bye wakolere, kubanga obasanyusya. 55Era bagande bo, Sodomu na bawala be, baliira mu bukulu bwabwe obw'eira, n'e Samaliya n'a bawala be baliira mu bukulu bwabwe obw'eira, weena n'a bawala bo muliira mu bukulu bwanyu obw'eira.56Kubanga mugande wo Sodomu omunwa gwo tigumwatulanga ku lunaku olw'amalala go; 57obubbiibi bwo nga bikaali kubiikulwa, nga mu biseera abawala ab'e Busuuli lwe bavumire n'abo bonabona abamwetooloire, abawala aba Bafirisuuti abakugirira ekyeju enjuyi gyonagyona. 58Wabbaireku obukaba bwo n'emizizyo gyo, bw'atumula Mukama.59Kubanga Ati bw'atumula Mukama Katonda nti ndikukolera dala nga bw'okolere, iwe eyanyoomere ekirayiro n'omenya endagaanu.60Era naye nze ndiijukira endagaanu gye nalagaine naiwe mu naku egy'obutobuto bwo, era ndinywezya eri iwe endagaanu eteriwaawo. 61Kale kaisi noijukira amangira go, n'okwatibwa ensoni, bw'oliweebwa bagande bo, bagande bo abakulu n'a bagande bo abatobato: era ndibakuwa okubba abawala, naye ti lwe ndagaanu yo.62Era ndinywezya endagaanu yange naiwe; kale olimanya nga ninze Mukama: 63Kaisi oijukire n'oswala n'oleka okwasama ate omunwa gwo olw'e nsoni gyo; bwe ndimala okukusonyiwa byonabyona bye wakolere, bw'atumula Mukama Katonda.
1Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Omwana w'omuntu, leeta ekikooko ogerere enyumba ya Isiraeri olugero; 3otumule nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Eikookooma einene eririna ebiwawa ebinene n'ebiwawa ebiwanvu eririku ebyoya bingi, ey'amabala agatali gamu, yaizire ku Lebanooni, n'etwala obusongeryo bw'omuvule: 4yanogereku amasanso gagwo amatomato agakomererayo, ne gutoolayo ne gutwala mu nsi ey'obusuubuzi; yagusimbire mu kibuga eky'a basuubuzi.5Era yatwaire n'o ku nsigo ey'o mu nsi, ne gisiga mu itakali eijimu; yaguteekere awali amaizi amangi ne gusimba ng'o musafusafu. 6Ne gumera ne gubba muzabbibu ogulanda omumpimpi, amatabi gagwo ne gagikyukira n'emizi gyagwo gyabbaire wansi wayo: kale ne gubba muzabbibu ne gusuula amatabi, ne gumera amasanso.7Era wabbairewo ne ikookooma einene erindi, eryabbaire ebiwawa ebinene ne byoya bingi: kale, bona, omuzabbibu ogwo ne gugiwetera emizi gyagwo, ne gumera amatabi gagwo okwaba gyeriri, okuva mu bibbiiibi mwe gwasimbiibwe, egufukiriire amaizi. 8Gwasimbiibwe mu itakali eisa awali amaizi amangi, gusuule amatabi era gubale ebibala, gubbenga omuzabbibu omusa.9Tumula nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Gulibona omukisa? talisimbula mizi gyagwo, n'asalaku ebibala byagwo, guwotoke; amalagala gaagwo gonagona amabisi agamera gawotoke; waire nga wabula buyinza bungi waire abantu bangi okugusimbula n'emizi gyagwo? 10Niiwo awo, bona, bwe gusimbibwa gulibona omukisa? teguliwotokera dala, empunga egy'ebuvaisana bwe gigukomaku? guliwotokera mu bibbiiibi mwe gwakuliire.11Era ate ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 12Koba enyumba enjeemu nti timumaite bigambo bino amakulu gaabyo bwe gali? bakobere nti bona, kabaka w'e Babulooni yaizire e Yerusaalemi n'awamba kabaka waayo n'abakungu baayo n'abaleeta gy'ali e Babulooni;13era n'atwala ku izaire lya kabaka, n'alagaana naye endagaanu; era n'amulayirya ekirayiro, n'atoolayo ab'amaani ab'omu nsi: 14obwakabaka bwikaikane, buleke okwegulumizya, naye bunywere olw'okukwata endagaanu ye.15Naye n'amujeemera ng'atuma ababaka be mu Misiri, bamuwe embalaasi n'abantu bangi. Alibona omukisa? aliwona oyo akola ebifaanana bityo? alimenya endagaanu, era naye n'ewona? 16Nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama Katonda, mazima mu kifo kabaka mw'abba eyamufiire kabaka, gwe yanyoomereku ekirayiro kye n'amenya endagaanu ye, oyo aliyo wakati mu Babulooni gy'alifiira.17So n'o Falaawo n'eigye lye ery'amaani n'ekibiina ekinene talibbaaku ky'amugasa mu ntalo, bwe balituuma ebifunvu ne bazimba ebigo, okuzikirirya abantu bangi. 18Kubanga anyoomere ekirayiro ng'amenya endagaanu; era, bona, yabbaire awaire omukono gwe, era yena akolere ebyo byonabyona; taliwona.19Mukama Katonda kyava atumula ati nti nga bwe ndi omulamu, mazima ekirayiro kyange ky'anyoomere n'endagaanu yange gy'amenyere ndibituukya n'okubituukya ku mutwe gwe iye. 20Era ndimusuulaku ekitimba kyange, era ndimutwala e Babulooni, era ndiwozerya naye eyo olw'ekyonoono kye, kye yanyonoonere. 21Era abairuki be bonabona mu bibiina bye byonabyona baligwa n'ekitala, n'abo abalisigalawo balisaansaanyizibwa eri empewo gyonagyona kale mulimanya nga ninze Mukama ntumwire.22ati bw'atumula Mukama Katonda nti Era nditwala ku busongeryo obwa waigulu obw'omuvule ne mbusimba; ndinogaku ku masanso gaagwo amatomato agakomererayo ensanso erimu eigondi, era ndirisimba ku lusozi oluwanvu olugulumivu: 23ku lusozi olw'entiiko ya Isiraeri kwe ndirisimba kale lirisuula amatabi ne libala ebindi, ne gubba omuvule omusa era wansi wagwo wabbanga enyonyi gyonagyona egy'ebiwawa byonabyona; mu kiwolyo eky'amatabi gagwo we gyatyamanga.24N'emisaale gyonagyona egy'omu itale girimanya nga ninze Mukama nkakanyairye omusaale omuwanvu, era nga ngulumizirye omusaale omumpi, era nga nkalirye omusaale ogwamerere, era nga njeezerye omusaale omukalu: nze Mukama ntumwire era nkikolere.
1Ekigambo kya Mukama kyangiziire ate nga kitumula nti 2Mubbaire mutya n'okugera ni mugerera olugero luno ensi ye Isiraeri nga mutumula nti Baitawabwe baliire eizabbibu eginyuunyuntula n'amainu g'abaana ganyenyeera?3Nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama Katonda, temulibba ne nsonga ate okugera olugero olwo mu Isiraeri. 4Bona, emeeme gyonagyona gyange; ng'e meeme ya itaaye, n'e meeme y'omwana etyo yange: emeeme ekola ekibbiibi niiyo erifa.5Naye omuntu bw'abba omutuukirivu n'akola ebyalagiirwe eby'ensonga, 6so nga taliiriire ku nsozi, so nga tayimusirye maiso ge eri ebifaananyi eby'enyumba ya Isiraeri, so nga tayonoonere mukali w'o mwinaye, so nga tasembereire mukali mu biseera eby'okweyawula kwe;7so nga talyazaamaanyizirye muntu yenayena, naye eyairiryanga omwewoli omusingo gwe, so nga tanyagire muntu yenayena lw'a maani, era eyawanga omuyala emere ye n'abiikanga oyo ali obwereere n'ekivaalo;8atawolanga lwa magoba, so nga taikiriryanga ebisuukirira byonabyona, eyatoireku omukono gwe ku butali butuukirivu, eyatuukiriryanga omusango ogw'amazima eri omuntu n'o mwinaye, 9eyatambuliranga mu mateeka gange, era eyakwatanga emisango gyange, okukolanga eby'amazima, oyo niiye mutuukirivu talireka kubba mulamu, bw'atumula Mukama Katonda.10Bw'alizaala omwana, omunyagi, ayiwa omusaayi, era akola ku ebyo byonabyona, 11so atakola ku ebyo byonabyona ebimugwaniire, naye okulya eyaliriire ku nsozi, n'ayonoona mukali w'o mwinaye,12eyalyazaamaanyire omwavu n'eyeetaaga, eyanyagire olw'a maani, so atakolere musingo, era eyayimusirye amaiso ge eri ebifaananyi, eyakolere eby'emizizyo, 13eyawolanga olw'a magoba, era eyaikiriirye ebisuukirira: kale alibba mulamu ono? taliba mulamu: akolere eby'emizizyo bino byonabyona: talireka kufa; omusaayi gwe gulibba ku niiye.14Bona, bw'alizaala omwana, abona ebibbiibi byonabyona ebya itaaye bye yakolere, n'atya n'atakola ebifaanana bityo, 15ataliiranga ku nsozi, so atayimusyanga maiso ge eri ebifaananyi eby'enyumba ya Isiraeri, atayonoonanga mukali wa mwinaye,16so atalyazaamaanyanga muntu yenayena, atasingirwanga kintu, so atanyaganga lwa maani, naye eyawanga omuyala emere ye, eyabiikanga oyo ali obwereere n'ekivaalo, 17eyatoireku omukono gwe eri omwavu, ataikiriryanga magoba waire ebisuukirira, eyatuukiriryanga emisango gyange, eyatambuliranga mu mateeka gange; oyo talifa lw'o butali butuukirivu bwa itaaye, talireka kubba mulamu.18Itaaye, kubanga yajoogere n'obulalu, n'anyaga mugande we olw'amaani, n'akola ebyo ebitali bisa mu bantu be, bona, alifiira mu butali butuukirivu bwe.19Era naye mutumula nti omwana kiki ekimuloberya okubbaaku obutali butuukirivu bwa itaaye? Omwana bw'abba nga akolere ebyalagiirwe eby'ensonga, era ng'akwaite amateeka gange gonagona, era ng'a gakolere, talireka kubba mulamu. 20Emeeme eyonoona niiyo erifa: omwana talibaaku butali butuukirivu bwa itaaye, so n'o itaaye talibbaaku butali butuukirivu bw'o mwana we; obutuukirivu obw'o mutuukirivu bulibba ku niiye, n'o bubbiibi obw'o mubbiibi bulibba ku niiye.21Naye omubbiibi bw'akyukanga okuleka ebibbiibi bye byonabyona bye yakolere n'akwata amateeka gange gonagona, n'akola ebyalagiirwe eby'ensonga, talireka kubba mulamu, talifa. 22Tiwalibba ku byonoono bye bye yayonoonere ebiriijukirwa ku iye: alibba omulamu mu butuukirivu bwe, bwe yakolere.23Nina eisanyu lye nsanyukira okufa kw'omubbiibi? bw'atumula Mukama Katonda: naye tintaka butaki airewo okuva mu ngira ye abbe omulamu?24Naye omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali by'o butuukirivu n'akola ng'emizizyo gyonagyona bwe giri omuntu omubbiibi gy'akola, alibba mulamu? Tiwalibba ku bikolwa bye eby'o butuukirivu bye yakolere ebiriijukirwa: mu kyonoono kye ky'ayonoonere n'o mu kibbiibi kye ky'akolere, mu ebyo mw'alifiira.25Era naye mutumula nti engira ya Mukama teyekankana. Muwulire , ai enyumba ya Isiraeri: engira yange ti niiyo yekankana? amangira ganyu ti niigo gatekankana? 26Omuntu omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali byo butuukirivu n'afiira omwo; mu butali butuukirivu bwe bw'akolere mw'alifiira.27ate omuntu omubbiibi bw'akyukanga okuleka obubbiibi bwe bw'akolere n'akola ebyo ebyalagiirwe eby'ensonga, aliwonya emeeme ye okufa. 28Kubanga alowooza n'akyuka okuleka ebyonoono bye byonabyona by'akolere, talireka kubba mulamu, talifa.29Era naye enyumba ya Isiraeri batumula nti engira ya Mukama teyekankana. Ai enyumba ya Isiraeri, amangira gange ti ge gekankana? amangira ganyu ti niigo gatekankana? 30Kyendiva mbasalira omusango, ai enyumba ya Isiraeri, buli muntu ng'amangira ge bwe gali, bw'atumula Mukama Katonda. Mwirewo, mukyuke okuleka ebyonoono byanyu byonabyona; kale obutali butuukirivu buleke okubazikirirya.31Musuule wala mwena ebyonoono byanyu byonabyona bye mwonoonere; mwekolere omwoyo omuyaka n'omwoyo omuyaka: kubanga kiki ekibatakisya okufa, ai enyumba ya Isiraeri? 32Kubanga mbula isanyu ly'o kusanyukira lw'o kufa kw'oyo afa, bw'atumula Mukama Katonda: kale mwekyusye muleke okufa.
1Era ate tandiika okukungubagira abakungu ba Isiraeri, 2Otumule nti mawo kyabbaire kiki? Mpologoma nkali: yagalamiranga mu mpologoma, wakati mu mpologoma entonto mwe yayonkyeirye abaana baayo. 3N'akulirye imu ku baana baayo; n'ebba mpologoma entonto: n'eyega okukwata omuyiigo, n'erya abantu. 4Era n'amawanga ni gagiwulira; yakwatiibwe mu biina bwabwe; ni bagireeta n'amalobo mu nsi y'e Misiri.5Awo enkali bwe yaboine ng'erindiriire n'e isuubi lyayo nga ligotere, kaisi n'e irira omwana gwayo ogundi, n'egufuula empologoma entonto. 6N'etambulatambula mu mpologoma, yafuukire empologoma entonto: era yayigire okukwata omuyiggo, yaliire abantu. 7Era yamaite amanyumba gabwe, n'ezikya ebibuga byabwe; ensi n'erekebwawo ne byonabyona ebyabbairemu olw'e idoboozi ery'okuwuluguma kwayo.8Awo amawanga ni bagirumba enjuyi gyonagyona nga geema mu masaza: ni bagisuulaku ekitimba kyabwe; n'ekwatibwa mu biina byabwe. 9Ne bagisiba mu ijiririryo n'amalobo, ne bagitwala eri kabaka w’e Babulooni; baagitwaire mu bigo, eidoboozi lyayo lireke okuwulirirwa ate ku nsozi gya Isiraeri.10Mawo yabbaire ng'omuzabbibu mu musaayi gwo, ogwasimbiibwe awali amaizi: yabbaire mugimu, yaizwire amatabi olw'amaizi amangi. 11Era yabbaire nemiigo eminywevu okubba emiigo egy'obwakabaka egy'abo abaafuganga, n'obukulu bwabwe bwagulumiziibwe wakati mu matabi amaziyivu ne balengerwa olw'obuwanvu bwabwe nga balina olufulube lw'a matabi gabwe.12Naye yasimbuliibwe olw'ekiruyi; yasuuliibwe wansi, empunga egy'e buvaisana ne gikalya ebibala bye: emiigo gye eminywevu ni giwogokaku ni giwotoka; omusyo ni gugookya. 13Awo atyanu asimbiibwe mu idungu, mu nsi enkalu ey'emiyonta.14Era omusyo guviire mu miigo egy'amatabi ge, gwokyerye ebibala bye, ni kutabba ku iye omwigo munywevu okubba omwigo ogw'o bwakabaka ogw'okufuga. Ebyo by'o kukungubaga, era biribba by'o kukungubaga.
1Awo olwatuukire mu mwaka ogw'omusanvu mu mwezi ogw'okutaanu ku lunaku olw'omwezi olw'eikumi, abamu ku bakaire ba Isiraeri ne baiza okubuulya Mukama ne batyama mu maiso gange.2Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 3Mwana w'o muntu, tumula n'abakaire ba Isiraeri obabobe nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Mwize okumbuulya? Nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama Katonda, tinabuulibwe imwe.4Wabasalira, omwana w'omuntu, wabasalira omusango? Bamanyisye emizizyo gya bazeiza baabwe; 5obakobe nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti ku lunaku lwe nerobozerye Isiraeri ne nyimusya omukono gwange eri eizaire ery'enyumba ya Yakobo, ni neemanyisya eri ibo mu nsi y'e Misiri, bwe nayimusirye omukono gwange eri ibo, nga ntumula nti ninze Mukama Katonda wanyu; 6ku lunaku olwo nayimusirye omukono gwange eri ibo okubatoola mu nsi y'e Misiri, okubayingirya mu nsi gye nabbaire mbaketeire, ekulukuta amata n'omujenene gw'enjoki, niikyo ekitiibwa ky'ensi gyonagyona:7ni mbakoba nti Musuule buli muntu emizizyo egy'amaiso ge, so temweyonoonesyanga n'ebifaananyi eby'e Misiri; ne Mukama Katonda wanyu.8Naye ne banjeemera ne batataka kumpulira; tebaaswire buli muntu emizizyo egy'amaiso gaabwe, so tibaalekere bifaananyi bye Misiri: kale ne ntumula okubafukaku ekiruyi kyange, okutuukirirya obusungu bwange ku ibo wakati mu nsi y'e Misiri. 9Naye nakola olw'eriina lyange lireke okuvumisibwa mu maiso g'a mawanga, mwe babbaire, ba neetegerezerye mu maiso gaabwe gye babbaire, nga mbatoola mu nsi y'e Misiri.10Awo ne mbatambulya okuva mu nsi y'e Misiri, ni mbaleeta mu idungu. 11Awo ni mbawa amateeka gange ni mbalaga emisango gyange, omuntu bw'akola egyo alibba mulamu mu igyo. 12Era ate ni mbawa sabbiiti gyange, okubba akabonero wakati wange nabo, kaisi bamanye nga ninze Mukama abatukulya.13Naye enyumba ya Isiraeri ni banjeemera mu idungu: tibaatambuliranga mu mateeka gange, ni bagaana emisango gyange, omuntu bw'akola egyo alibba mulamu mu igyo; n'o sabbiiti gyange ne bagyoonoona inu; kale ne ntumula okubafukiraku ekiruyi kyange mu idungu okubamalawo. 14Naye ni nkola olw'eriina lyange lireke okuvumisibwa mu maiso g'a mawanga be nabatoleire mu maiso gabwe.15Era ate ne mbayimusirya omukono gwange mu idungu nga tinjaba kubaleeta mu nsi gye nabbaire mbawaire, ekulukuta amata n'omujenene gw'enjoki, niikyo ekitiibwa ky'ensi gyonagyona; 16kubanga bagaine emisango gyange ni batatambuliranga mu mateeka gange ni boonoonanga sabbiiti gyange: kubanga omwoyo gwabwe gwasengereryanga ebifaananyi byabwe. 17Era naye eriiso lyange ni libasonyiwa okuzikirizibwa, so tinabamaliirewo dala mu idungu.18Awo ni nkobera abaana baabwe mu idungu nti timutambuliranga mu mateeka ga bazeiza banyu so temwekuumanga misango gyabwe so temweyonoonesya n'ebifaananyi byabwe: 19ninze Mukama Katonda wanyu; mutambulirenga mu mateeka gange, mukwatenga emisango gyange mugikolenga: 20era mutukulyenga esaabbiiti gyange; era gyabbanga kabonero wakati wange naimwe, mumanye nga ninze Mukama Katonda wanyu.21Naye abaana ne banjeemera; tebaatambuliranga mu mateeka gange so tebaakwatanga misango gyange okugikolanga, omuntu bw'akola egyo alibba mulamu mu igyo; bayonoonanga sabbiiti gyange; kale ni ntumula okubafukiraku ekiruyi kyange okutuukirirya obusungu bwange eri ibo mu idungu. 22Era naye ni ngirya omukono gwange ni nkola olw'eriina lyange lireke okuvumisibwa mu maiso g'amawanga be nabatooleire mu maiso gabwe.23Era ate ne mbayimusirya omukono gwange mu idungu nga ndibasaansaanirya mu mawanga ni mbatataaganyirya mu nsi nyingi; 24kubanga babbaire tebatuukirirya misango gyange, naye nga bagaine amateeka gange, era nga boonoonere esabbiiti gyange, n'amaiso gaabwe gabbaire nga gasengererya ebifaananyi bya bazeiza baabwe.25Era ate ni mbawa amateeka agatali masa, n'emisango gye batayabire kubbamu balamu; 26ni mbagwagwawalya olw'ebirabo byabwe ibo, kubanga babityanga mu musyo bonabona abaigulanda, kaisi mbamaleku byonabona, era bamanye nga ninze Mukama.27Kale, mwana w'o muntu, tumula n’e nyumba ya Isiraeri obakobe nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti era ne mu kino bazeiza banyu mwe banvumiire, kubanga bansoberyeku ekyonoono. 28Kubanga bwe nabbaire mbayingiirye mu nsi gye nayimusiirye omukono gwange okubawa, kale ne babona buli lusozi oluwanvu na buli musaale omuziyivu, ni baweeranga eyo saadaaka gyabwe, era eyo gye baaleeteranga ekiweebwayo kyabwe ekinyiiza, era eyo gye banyookereryanga akaloosa kaabwe, ni bafukanga ebiweebwayo byabwe eby’okunywa. 29Awo ne mbakoba nti ekifo ekigulumivu gye mwaba amakulu gaakyo ki? Awo eriina lyakyo ne kituumibwa Bama ne watyanu.30Kale koba enyumba ya Isiraeri nti Ati bw'a tumula Mukama Katonda nti Mweyonooneserye ng'engeri bwe yabbaire eya bazeiza banyu? era mwenda okusengererya emizizyo gyabwe? 31era bwe muwaayo ebirabo byanyu, bwe mubitya bataane banyu mu musyo, mweyonooneserye n'ebifaananyi byanyu byonabyona ne watyanu? kale nabuulibwe imwe, ai enyumba ya Isiraeri? Nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama Katonda, timbuulibwe imwe: 32n'ekyo ekiyingira mu mwoyo gwanyu tekiribbaawo n'akadiidiiri; kubanga mutumula nti twabba ng'amawanga, ng'ebika eby'omu nsi, okuweererya emisaale n'amabbaale.33Nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama Katonda, mazima ndibba kabaka wanyu n'engalo egy'amaani n'omukono ogwagoloilwe n'ekiruyi ekifukiibwe: 34era ndibatoola mu mawanga ne mbakuŋaanya okubatoola mu nsi mwe mwasaansaanyiziibwe, n'engalo egy'a maani n'o mukono ogugoloirwe n'e kiruyi ekifukiibwe: 35era ndibaleeta mu idungu ery'a mawanga, era ndiwozerya eyo naimwe nga tulingagagana maiso n'a maiso.36Nga bwe nawozeirye na bazeiza banyu mu idungu ery'ensi y'e Misiri, ntyo bwe ndiwozya naimwe, bw'atumula Mukama Katonda. 37Era ndibabitya wansi w'omwigo, era ndibayingirya mu busibe bw'endagaanu; 38era ndibamaliramu dala abajeemu, n'abo abansoberye; ndibatoola mu nsi mwe batyama, naye tibaliyingira mu nsi ye Isiraeri: kale mulimanya nga ninze Mukama.39Mwena, Ai enyumba ya Isiraeri, ati bw'a tumula Mukama Katonda nti mwabe muweererye buli muntu ebifaananyi bye, era n'o luvanyuma, bwe mutaliikirirya kumpulira: naye eriina lyange eitukuvu timuliryonoona ate n'ebirabo byanyu n'ebifaananyi byanyu.40Kubanga ku lusozi lwange olutukuvu, ku lusozi olw'entiiko ya Isiraeri, bw'atumula Mukama Katonda, okwo enyumba yonayona eya Isiraeri, ibo bonabona, kwe balimpeerererya mu nsi; eyo gye ndibaikiririrya, era eyo gye ndibasalirira ebiweebwayo byanyu n'ebibala ebiberyeberye eby'ebitone byanyu wamu n'ebintu byanyu byonabyona ebitukuvu. 41Ndibaikirirya ng'akaloosa, bwe ndibatoola mu mawanga ni mbakuŋaanya okubatoola mu nsi mwe mwasaasaanyiziibwe; kale nditukuzibwa mu imwe mu maiso g'a mawanga.42Awo mulimanya nga ninze Mukama, bwe ndibayingirya mu nsi ya Isiraeri, mu nsi gye nayimusiirye omukono gwange okugiwa bazeiza banyu. 43Awo muliijuukirira eyo amangira ganyu n'ebikolwa byanyu byonabyona bye mwegwagwawairye nabyo; era mulyetamwa mu maiso ganyu imwe olw'ebibbiibi byanyu byonabyona bye mwakolere. 44Kale mulimanya nga ninze Mukama, bwe ndimala okukola gye muli olw'e riina lyange, ti ng'a mangira ganyu amabbiibi bwe gali, so ti ng'e bikolwa byanyu ebikyamu bwe biri, Ai imwe enyumba ya Isiraeri, bw'atumula Mukama Katonda.45Ekyigambo kya Mukama kyagya gyendi nga kigamba 46Omwana w'omuntu, simba amaiso go obukiika obulyo, otonyesye ekigambo kyo okwolekera obukiika obulyo, olagulire ku kibira eky'enimiro ey'obukiika obulyo; 47okobe ekibira eky'obukiika obulyo nti wulira ekigambo kya Mukama; ati bw'atumula Mukama Katonda nti bona, ndikuma omusyo mu iwe ne gwokya buli musaale ogwera oguli mu iwe na buli musaale mukalu: enimi egy'omusyo egyaka tegirizikiziibwa, n'amaiso gonagona okuva obukiika obulyo okutuuka obukiika obugooda galiya nagwo.48Kale bonabona abalina omubiri balibona nga ninze Mukama ngukumire: tigulirikiribwa. 49Awo ni ntumula nti woowe, Mukama Katonda! bantumulaku nti ti mugezi we ngero?
1Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Omwana w'omuntu, simba amaiso go okwolekera e Yerusaalemi, otonyesye ekigambo kyo okwolekera ebifo ebitukuvu, olagulire ku nsi ye Isiraeri; 3okobe ensi ye Isiraeri nti Ati bw'atumula Mukama nti bona, ndi mulabe wo, era ndisowola ekitala kyange ne nkitoola mu kiraato kyakyo, ni nkumaliramu dala omutuukirivu n'o mubbiibi.4Kale kubanga ndikumaliramu dala omutuukirivu n'o mubbiibi, ekitala kyange kyekiriva kifuluma mu kiraato kyakyo okutabaala bonabona abalina omubiri, okuva obukiika obulyo okutuuka obukiika obugooda: 5kale bonabona abalina omubiri balimanya nga ninze Mukama nsowoire ekitala kyange ne nkitoola mu kiraato kyakyo; tekiriira ate lw'o kubiri.6Kale teeka ebiikowe, iwe mwana w'omuntu; amabega go nga gakusonjokere era ng'oliku obwinike bw'oliweera ebiikowe otyo ibo nga babona. 7Kale olwatuuka bwe bakukobba nti lwaki iwe okuteeka ebiikowe? n'otumula nti Olw'ebigambo ebiwuliirwe, kubanga biiza: na buli mwoyo gulisaanuuka, n'emikono gyonagyona giriyongobera, na buli mwoyo gulizirika, n'amakumbo gonagona galibba manafu ng'amaizi: Bona, biiza, era birikolebwa, bw'atumula Mukama Katonda.8Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 9Mwana w'o muntu, lagula otumule nti ati bw'atumula Mukama nti tumula nti ekitala, ekitala kiwagairwe era kizigwirwe:10kiwagairwe kiite ekiwendo; kizigwiirwe kibbe ng'enjota: kale twasanyuka? omwigo ogw'omwana we gunyooma buli musaale. 11Era kiweweibweyo okuzigulwa, kaisi kikwatibwe: ekitala kiwagairwe, niiwo awo, kizigwirwe, okukiwaayo mu mukono gw'o mwiti.12Kunga era wowogana, omwana w'omuntu: kubanga kiri ku bantu bange, kiri ku bakungu bonabona aba Isiraeri: baweweibweyo eri ekitala wamu n'abantu bange: kale kubba ku kisambi kyo. 13Kubanga waliwo okusala omusango; era kiriba kitya omwigo gwona ogugaya bwe gulibba nga tigukaali guliwo? bw'atumula Mukama Katonda.14Kale iwe, mwana w'o muntu, lagula okubbe mu ngalo; ekitala kyongerwe omulundi ogw'o kusatu, ekitala eky'abasumitiibwe okufa: niikyo kitala ky'omukulu, asumitiibwe okufa, ekiyingira mu bisenge byabwe.15Nteekere omumwa gw'ekitala ku miryango gyabwe gyonagyona, omumwoyo gwabwe gusaanuuke n'okwesiitala kwabwe kwongerwe inu: ee! kifuukire ng'enjota, kisongoirwe olw'okwita. 16Weekuŋaanye, tambulira ku mulyo; tala, tambulira ku mugooda; yonnayona amaiso go gye goolekeire. 17Era ndikubba mu ngalo, ni ngikutya ekiruyi kyange: nze Mukama nkitumwire.1818 Ekigambo kya Mukama ne kingizira ate nga kitumula nti 19Era, omwana w'o muntu, weeteekerewo amangira mabiri ekitala kya kabaka w'e Babulooni mwe kyafuluma; ago gombiri galiva mu nsi imu: obone ekifo, okirambire engira eira mu kibuga we sibuka. 20Oteekewo engira ekitala mwe kyafuluma okutuuka e Labba eky'a baana ba Amoni n'okutuuka eri Yuda mu Yerusaalemi ekiriku enkomera.21Kubanga kabaka w'e Babulooni yayemereire mu masaŋangira, amangira gombiri we gasibuka; okulagulwa: yazungiryezungirye obusaale, ne yeebuulya ku baterafi, n'akebera eini. 22Mu mukono gwe omulyo nga mulimu obulaguli obw'e Yerusaalemi, okusimba ebitomera, okwasamira omunwa okwita, okuyimusya eidoboozi n'okutumulira waigulu, okusimba ebitomera ku miryango, okutuuma ebifunvu, okuzimba ebigo. 23Era bulibba gye bali ng'obulaguli obubulamu mu maiso gaabwe ababalayiriire ebirayiro: naye aijukirya obutali butuukirivu, kaisi bakwatibwe.24Mukama Katonda kyava atumula ati nti Kubanga mwijukiirye obutali butuukirivu bwanyu, kubanga okusobya kwanyu kubikwirweku, ebibbiibi byanyu n'okuboneka ne biboneka mu bikolwa byanyu byonabyona; kubanga mwijukiirwe, mulikwatibwa n'o mukono.25Wena, ai iwe omubbiibi asumitiibwe okufa, omukulu wa Isiraeri, aiziriirwe olunaku lwo, mu biseera eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero; 26ati bw'atumula Mukama Katonda nti Toolawo enkofiira otikuleku engule: ekyo tikiribba ate kityo: gulumizya ebiikaikaine, oikaikanye ebigulumiziibwe. 27Ndikifuundika, ndikifuundika, ndikifuundika: so n'ekyo tikiribba ate, okutuusya mwene wakyo lw'aliiza, era ndikimuwa.28Weena, omwana w'omuntu, lagula otumule nti ati bw'a tumula Mukama Katonda eby'a baana ba Amoni n'e by'o kuvuma kwabwe; otumule nti ekitala, ekitala kisowoirwe, kiziguliirwe ekiwendo, okukiriisya, kibbe ng'enjota: 29nga bwe bakubonera ebyayangire, nga bwe baakulagula eby'obubbeeyi, okukuteeka ku makoti g'ababbiibi abasumitiibwe okufa abaiziirwe olunaku lwabwe, mu biseera eby'obutali butuukirivu obw'enkomerero.30Kiizire mu kiraato kyakyo. Mu kifo mwe watondeirwe, mu nsi mwe wazaaliirwe, mwe ndikusalirira omusango. 31Era ndikufukiraku dala okunyiiga kwange; ndikufuuwaku omusyo ogw'obusungu bwange: era ndikuwaayo mu mukono gw'abantu abali ng'ensolo ab'amagezi okuzikirirya.32Olibba nku gy'o musyo; omusaayi gwo gulibba wakati mu nsi; toliijukirwa ate: kubanga ninze Mukama nkitumwire.
1Era ate ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Wena, mwana w'o muntu, wasala omusango, wasala omusango ogw'ekibuga eky'omusaayi? kale kimanyisye emizizo gyakyo gyonagyona. 3Era tumula nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti ekibuga ekiyiwa omusaayi wakati mu ikyo so, ekiseera kyakyo kituukire, ekikola ebifaananyi okweyonoona okwegwagwawalya!4Okolere omusango ogw'omusaayi gwo gw'o yiwire, era ogwagwawazibwa n'ebifaananyi byo bye wakolere; era osembeirye enaku gyo, era otuukire n'o mu myaka gyo: kyenviire nkufuula ekivumi eri amawanga, n'e ky'o kukudaalira eri ensi gyonagyona. 5Abo abakuli okumpi, n'abo abakuli ewala balikukudaalira, iwe alina eriina ery'o bugwagwa era aizwire okusasamala.6bona, abakungu ba Isiraeri, buli muntu ng'o buyinza bwe, bwe buli, baabbanga mu iwe okuyiwa omusaayi. 7Mu iwe mwe baanyoomeranga itawabwe n'o mawabwe; wakati mu iwe mwe bakoleranga omugeni eby'okujooga: mu iwe mwe baalyazaamaanyanga abula itaaye n'o namwandu. 8Wanyoomanga ebintu byange ebitukuvu, n'oyonoonanga sabbiiti gyange. 9Abasaiza abawaayirirya baabbanga mu iwe okuyiwa omusaayi: n'o mu iwe mwe baliiranga ku nsozi: wakati mu iwe mwe bakoleranga eby'obukaba.10Mu iwe mwe babikuliire ku bwereere bwa itawabwe: mu iwe mwe bakwatira N'a maani omukali eyabbaire nga ti mulongoofu olw'okweyawula kwe. 11Era waliwo akolere eky'omuzizyo n'o mukali wa mwinaye; era waliwo n'ogondi ayonoonere n'obukaba muk'o mwana we; era waliwo n'o gondi mu iwe eyakwaite mwanyoko we muwala wa itaaye. 12Mu iwe mwe baliiriire enguzi okuyiwa omusaayi; wasoloozerye amagoba ne bisukirira, era baliraanwa bo wabaviisiryemu amagoba ng'okwatiibwe omuwudu ng'ojooga, era oneerabiire nze, bw'atumula Mukama Katonda.13Bona, amagoba go agatali ga mazima ge wagobere kyenaviire ngakubbira mu ngalo n'o musaayi gwo ogwabbanga wakati mu iwe. 14Omwoyo gwo gulisobola okugumiinkirirya, oba emikono gyo girisoboka okubba n'a maani, mu naku mwe nditeeserya ebibyo? nze Mukama nkitumwire n'okukola ndikikola. 15Era ndikusaasaanirya mu mawanga, ni nkutaataaganirya mu nsi nyingi; era ndikumalamu empitambiibbi yo. 16Awo oligwagwawazibwa ku bubwo wenka mu maiso g'amawanga; kale olimanya nga ninze Mukama.17Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 18Mwana w'o muntu, enyumba ya Isiraeri efuukire amasengere gye ndi: ne bonabona bikomo na masasi ne byoma ne ibaati wakati mu kikoomi; masengere ge feeza. 19Mukama Katonda kyava atumula ati nti Kubanga mwenamwena mufuukire masengere, bona, kyendiva mbakuŋaanya mu Yerusaalemi wakati.20Nga bwe bakuŋaanya efeeza n'e bikomo n'e byoma n'a mabaati n'amasasi mu kyoto wakati okubifukutaku omusyo okubisaanuukya; ntyo bwe ndibakuŋaanya imwe nga ndiku obusungu n'ekiruyi, era ndibateekawo ni mbasaanuukya. 21Niiwo awo, ndibakuŋaanya ni mbafukutaku omusyo ogw'obusungu bwange, mwena mulisaanuuka wakati mu ikyo. 22Ng'e feeza bw'esaanuukira wakati mu kyoto, mwena bwe mulisaanuukira mutyo wakati mu ikyo; kale mulimanya nga ninze Mukama mbafukireku ekiruyi kyange.23Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 24Mwana w'o muntu, kikobe nti iwe oli nsi eterongoosebwa, so tetonyebwaku maizi ku lunaku olw'okunyiigiraku. 25Waliwo okwekobaana kwa banabbi baakyo wakati mu ikyo ng'empologoma ewuluguma etaagulataagula omuyigo: ariire emeeme gy'abantu; banyaga eby'o bugaiga n'e by'o muwendo omungi; bafiire banamwandu baakyo okubba abangi wakati mu ikyo.26Bakabona baakyo bagiriire ekyeju amateeka gange, era bagwagwawairye ebintu byange ebitukuvu: tebaawireemu bitukuvu n’ebitali bitukuvu, so tibayigiriirye bantu okwawulamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, era bagisire amaiso gaabwe esabbiiti gyange, nzena nvumisibwa mu ibo. 27Abakungu baakyo wakati mu ikyo bali ng'emisege egitaagulataagula omuyiigo; okuyiwa omusaayi n'okuzikirirya emeeme kaisi bafune amagoba agatali ga mazima. 28Era banabbi baakyo babasiigiireku eibbumba eritasekwirwe kusa, nga babona ebyayangire era nga babalagula eby'obubbeeyi, nga batumula nti Ati bw'atumula Mukama Katonda, Mukama nga so tatumwire.29Abantu ab'o mu nsi bajoogere, ni basengererya okunyaga; Niiwo awo, beeraliikiriirye omwavu n'eyeetaaga, era bajoogere munaigwanga nga bamulanga bwereere.30Ne nsagira Omusaiza mu ibo eyandidaabiriirye olukomera n'ayemerera mu kituli ekiwagwirwe mu maiso gange ku lw'e nsi, ndeke okugizikirirya: naye ne ntabona n'o mumu. 31Kyenviire mbafukaku okunyiiga kwange; mbamalirewo n'o musyo ogw'o busungu bwange: ndetere ku mutwe gwabwe engira yabwe ibo, bw'atumula Mukama Katonda.
1Ekigambo kya Mukama ne kingizira ate nga kitumula nti 2Mwana w'o muntu, waaliwo abakali babiri, mawabwe mumu: 3ne benda mu Misiri; baayendere mu butobuto bwabwe: eyo amabeere gaabwe gye gaanyigiriziibwe, era eyo gye babbetentere enywanto egy'okubba nga bakaali kumanya musaiza. 4N'amaina gabwe Okola, omukulu, n'o Okoliba, mugande we: ne babba bange ne bazaala abaana ab'obwisuka n'ab'obuwala. N'amaina gaabwe, Samaliya niiyo Okola, ne Yerusaalemi niiyo Okoliba.5Okola n'ayenda bwe yabbaire owange; n'asuusuuta baganzi be, Abaasuli baliraanwa be, 6abavalanga kaniki, abakulu n'abaamasaza, bonabona baisuka abeegombebwa, abasaiza ab'embalaasi abeebagaire embalaasi. 7N'abagabira obwenzi bwe, bonabona basaiza ab'e Bwasuli abalonde: era buli gwe yasuusuutire, ne yeyonoonesya n'ebifaananyi byabwe byonabyona.8So talekangayo bwenzi bwe okuva mu naku egy'e Misiri; kubanga mu butobuto bwe bagonere naye, ne babbetenta enywanto egy'obutabba nga bakaali kumanya musaiza: ne bamufukaku obwenzi bwabwe. 9Kyenaviire muwaayo mu mukono gwa baganzi be, mu mukono gw'Abaasuli be yasuusuutiire, 10Abo baabiikula ku bwereere bwe: ne batwala abaana be ab'obwisuka n'a b'o buwala; naye ne bamulekula n'e kitala: n'afuuka ekigambo eky'obuwemu mu bakaali; kubanga baamukomekerezeryeku emisango.11No mugande we Okoliba n'abona ekyo, naye n'amusinga okukyama mu kusuusuuta kwe no mu bwenzi bwe obwabbanga obungi okusinga obwenzi bwa mugande we. 12Yasuusuutire Abaasuli, abaamasaza n'abakulu, baliraanwa be, abavaalanga engoye eginekaaneka einu, ab'embalaasi abeebagaire embalaasi, bonabona balenzi abeegombebwa. 13Ne mbona ng'agwagwawazibwa; bombiri bakwaite engira yimu.14iye n'ayongera ku bwenzi bwe; kubanga yaboine abasaiza abatonebwa ku kisenge, ebifaananyi eby'Abakaludaaya ebyatoneibwe n'egerenge; 15nga beesibire enkoba mu nkende, nga bagaziyirye ebiremba ng'ekifaananyi bwe kiri eky'Ababulooni mu Bukaludaaya, ensi mwe bazaaliirwe.16Awo mangu ago nga yakaiza ababone n'abasuunsuuta n'abatumira ababaka mu Bukaludaaya. 17Abababulooni ni baiza gy'ali mu kitanda eky'okutaka, ne bamwonoona n'obwenzi bwabwe, iye n'agwagwawazibwa nabo, omwoyo gwe ne gubatamwa.18Kale atyo n'abiikula ku bwenzi bwe n'abiikula ku bwereere bwe: kale omwoyo gwange ne gumutamwa, ng'omwoyo gwange bwe gwatamirwe mugande we. 19Era naye n'atumula ku bwenzi bwe, ng'aijukira enaku egy'obutobuto bwe, mwe yayendeire mu nsi ey'e Misiri.20Awo n'asuunsuuta baganzi baabwe, omubiri gwabwe ng'enyama y'endogoyi, n'ebibavaamu biri ng'ebiva mu mbalaasi. 21Otyo n'oijukira obukaba obw'omu buto bwo, enywanto gyo bwe gyabbetenteibwe Abamisiri olw'amabeere ag'omu buwala bwe.22Kale, iwe Okoliba, Ati bw'atumula Mukama Katonda nti bona, ndigolokosya ku iwe baganzi bo omwoyo gwo be gutamiirwe, ni mbaleeta okukulumba enjuyi gyonagyona: 23Abababulooni n'Abakaludaaya bonabona, Pekodi ne Sowa ne Kowa, n'Abaasuli bonabona wamu nabo: abalenzi abeegombebwa, bonabona bamasaza n'abakulu, abalangira n'abasaiza abaatiikirire, bonabona nga beebagaire embalaasi.24Era balikutabaala nga bakwaite eby'okulwanisya, amagaali ne mpanka, era nga balina ekibiina eky'amawanga; balyesimba okulwana naiwe, nga balina obugabo n'e ngabo n'e nkoofiira enjuyi gyonagyona: era ndibatiikira okusala emisango, ne bakusalira omusango ng'emisango gyabwe bwe giri. 25Era ndikusimbaku obuyaka bwange, boona balikubonererya n'ekiruyi; balikutoolaku enyindo yo n'a matu go; n'e kitundu kyo ekirifiikawo kirigwa n'ekitala: balitwala abaana bo ab'obwisuka n'ab'obuwala; n'ekitundu kyo ekirifiikawo kiryokyebwa omusyo.26Era balikwambulya ebivaalo byo; ne bakutoolaku eby'obuyonjo byo ebisa. 27Ntyo bwe ndimalyaawo gy'oli obukaba bwo n'o bwenzi bwo obwaviire mu nsi y'e Misiri: n'okuyimusya n'otobayimusirya ate amaiso go waire okwijukira Misiri ate.28Kubanga Ati bw'atumula Mukama Katonda nti bona, ndikuwaayo mu mukono gw'abo b'okyawa, mu mukono gw'abo omwoyo gwo be gutamiirwe: 29Boonw balikukola olw'obukyawi, balikutoolaku omulimu gwo gwonagwona, ne bakuleka ng'oli bwereere nga tobiikiibweku: obwereere obw'obwenzi bwo ni bubiikulibwa, obukaka bwo era n'o bwenzi bwo.30Ebyo birikukolebwa, kubanga wayendere okusengererya ab'amawanga era kubanga ogwagwawazibwa n'ebifaananyi byabwe. 31Watambuliire mu ngira ya mugande wo; kyendiva mpa ekikompe kyo mu mukono gwo.32Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Olinywa ku kikompe kya mugande wo, ekiwanvu era ekinene: olisekererwa dala n'oduulirwa: kirimu bingi.33Oliizula obutamiivu n'o bwinike, ekikompe eky'okusamaalirira n'okulekebwawo, ekikompe kya mugande wo Samaliya. 34Olikinywa n'o kobbyankira, n'o meketa engyo gyakyo, n'o kanula amabeere go: kubanga nze nkitumwiire, bw'atumula Mukama Katonda.35Mukama Katonda kyava atumula ati nti Kubanga oneerabiire, n'onsuula enyuma w'amabega go, kale weena bbaku obukaba bwo n'obwenzi bwo.36Era Mukama n'ankoba nti mwana w'o muntu, wasala omusango gwa Okola ne Okoliba? kale bakobere emizizyo gyabwe. 37Kubanga baayendere, n'o musaayi gudi mu mikono gyabwe, era baayendere ku bifaananyi byabwe; era na bataane baabwe be banzaaliire bababitirye mu musyo eri by'o kuliibwa.38Era ate bankolere kino: bonoonere ekifo kyange ekitukuvu ku lunaku olumu, era boonoonere esabbiiti gyange. 39Kubanga bwe baamalire okwitira abaana baabwe ebifaananyi byabwe, kale ne baiza ku lunaku olwo mu kifo kyange ekitukuvu okukyonoona; era, bona, batyo bwe bakolere wakati mu nyumba yange.40Era ate mwatumirye abantu abava ewala: abaatumiirwe omubaka, kale, bona, ni baiza; n'onaabira abo n'oziga amaiso go ne weeyonja n'eby'obuyonjo; 41n'otyama ku kitanda eky'ekitiibwa, emeenza ng'etegekeirwe mu maiso gaakyo, kwe wateekere obubaani bwange n'amafuta gange.42N'eidoboozi ery'ekibiina ekyegolola lyabbaire naye: abatamiivu ne baleetebwa okuva mu idungu wamu n'abasaiza abakopi; ne bateeka ebikomo ku mikono gy'abo bombiri, n'engule ensa ku mitwe gyabwe.43Awo ne ntumula ku oyo eyabbaire akairikire mu bwenzi nti atyanu benda ku iye, yena nabo. 44Ni bayingira gy'ali, nga bwe bayingiire eri omukali omwenzi: batyo bwe baayingiire eri Okola n'eri Okoliba, abakali abakaba. 45N'abatuukirivu, abo niibo balibasalira omusango ng'abakali abenzi bwe basalirwa omusango era ng'abakali abayiwa omusaayi bwe basalirwa omusango; kubanga benzi, n'omusaayi guli mu mikono gyabwe.46Kubanga Ati bw'atumula Mukama Katonda nti ndibaniinisirya ekibiina ne mbawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi n'okunyagibwa. 47Kale ekibiina kiribakubba Amabbaale, ni babasumita n'ebitala byabwe; baliita abaana baabwe ab'obwisuka n'ab'obuwala ne bookya enyumba gyabwe omusyo.48Ntyo bwe ndikomya obubona mu nsi, abakali bonabona bayigirizibwe obutakola ng'obukaba bwanyu bwe buli. 49Era balibasasula obukaba bwanyu, mwena mulibaaku ebibbiibi eby'ebifaananyi byanyu: kale mulimanya nga ninze Mukama Katonda.
1Ate mu mwaka ogw'omwenda mu mwezi ogw'eikumi ku lunaku olw'omwezi olw'eikumi ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Omwana w'omuntu, weewandiikire eriina ery'olunaku, ery'olunaku olwa watyanu: kabaka w'e Babulooni yasembereire Yerusaalemi ku lunaku luno.3Era ogerere enyumba enjeemu olugero obakobe nti ati bw'atumula Mukama Katonda nti Teekaku sefuliya, giteekeku, era ogifukemu amaizi: 4okuŋaanye ebifi byamu obiteekemu, buli kifi ekisa, ekisambi n'omukono; giizulye amagumba agasinga okusa. 5Irira ku mbuli esinga obusa, otuume amagumba wansi waayo: gyeserye kusa; niiwo awo, amagumba gaayo gafumbibwe wakati mu iyo.6Mukama Katonda kyava atumula ati nti Gisangire ekibuga eky'omusaayi, esefuliya omuli obutalagi bwayo, so n'obutalagi bwayo tibugiviiremu! gitoolemu kitundu kitundu; tegwiriirweku kalulu.7Kubanga omusaayi gwakyo guli wakati mu ikyo; kyaguteekere ku lwazi olwereere; tekyagufukire ku itakali okugubiikaku enfuufu; 8guniiniisye ekiruyi okuwalana eigwanga, kyenviire nteeka omusaayi gwakyo ku lwazi olwereere, guleke okubiikibwaku.9Mukama Katonda kyava atumula Ati nti Gisangire ekibuga eky'omusaayi! era nzena nditeekera enkoomi okubba enene. 10Tindikira enku nyingi, oyakisye omusyo, ofumbire dala enyama, okwatisye amaizi g'e nyama, amagumba gasiriire.11Kaisi ogiteeke ku manda gaayo nga ebulamu kintu, ebugume, n'ekikomo kyayo kiye, n'e mpitambiibbi yaayo esaanuuke mu iyo, obutalagi bwayo bumalibwewo. 12Kyekoowerye n'okutegana: era naye obutalagi bwakyo obungi tibukivaamu; obutalagge bwakyo tebuvaamu na musyo.13Mu mpitambibbi yo mulimu obukaba: kubanga nakulongooserye so tewalongooseibwe, kyoliva oleka okulongoosebwa empitambibbi yo ate n'akadiidiiri okutuusya lwe ndikuteeka ekiruyi kyange ku iwe.14Nze Mukama nkitumwire: kirituuka nanze ndikikola; tindiira nyuma so tindisonyiwa so tindyejusa; ng'amangira go bwe gali era ng'ebikolwa byo bwe biri, bwe balikusalira omusango, bw'atumula Mukama Katonda.15Era ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 16Omwana w'omuntu, bona, olibba olyawo ne nkutoolaku ekyo amaiso go kye geegomba: era naye towuubaalanga so tokunganga maliga so n'amaliga go galekenga okukulukuta 17Teeka ebikowe naye kasirise towuubaalira afiire, weesibe ekiremba kyo, onaanike engaito gyo mu bigere, so tobiika ku munwa gwo, so tolyanga ku mere ey'abantu.18Awo ne ntumula n'abantu amakeeri; olweigulo mukali wange n'afa: ne nkola amakeeri nga bwe nalagiirwe.19Abantu ne bankoba nti tootukobere ebigambo bino bwe biri ku ife, kyova okola otyo? 20Awo ni mbakoba nti Ekigambo kya Mukama kyangiziire nga kitumula nti 21koba enyumba ya Isiraeri nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti bona, ndyonoona ekifo kyange ekitukuvu, amalala ag'obuyinza bwanyu, amaiso ganyu kye geegomba, n'ekyo emeeme yanyu ky'esaasira; kale abaana banyu ab'obwisuka n'ab'obuwala be mwalekere enyuma baligwa n'ekitala.22Mwena mulikola nga nze bwe nkolere: timulibiika ku mimwa gyanyu so temulirya mere ya bantu. 23N'ebiremba byanyu biribba ku mitwe gyanyu, n'engaito gyanyu mu bigere byanyu: temuliwuubaala so temulikunga; naye muliyongoberera mu butali butuukirivu bwanyu, ne musinda buli muntu n'o mwinaye. 24Kityo Ezeekyeri alibba gye muli akabonero; nga byonabyona bwe biri by'akolere mutyo bwe mulikola: ekyo bwe kiriiza, kale kaisi ne mutegeera nga ninze Mukama Katonda.25Wena, mwana w'o muntu, ku lunaku lwe ndibatoolaku amaani gaabwe, eisanyu ery'ekitiibwa kyabwe, amaiso gaabwe kye geegomba, n'ekyo kye bateekaku omwoyo gwabwe, abaana baabwe ab'obwisuka n'ab'obuwala, 26kale ku lunaku olwo tikiribba kityo ng'oyo aliwona aliiza gy'oli okukikuwulirya n'a matu go! 27Ku lunaku lwo omunwa gwo gulyasamira oyo alibba ng'a wonere, n'o tumula so tolibba kasiru ate: kityo olibba kabonero gye bali; kale balimanya nga ninze Mukama.
1Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Mwana w'o muntu, simba amaiso okwolekera abaana ba Amoni, obalagulireku.3okobe abaana ba Amoni nti Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda: Ati bw'atumula Mukama nti Kubanga watumwire nti siisiikya, eri awatukuvu wange, bwe wayonooneka; n'eri ensi ya Isiraeri bwe yazikiibwa; n'eri enyumba ye Yuda bwe baaba mu busibe: 4bona, kyendiva nkuwaayo eri abaana ab'ebuvaisana okubba obutaka, kale balisiisira ensiisira gyabwe mu iwe, ne batyama mu iwe; balirya ebibala byo, era balinywa amata go. 5Era ndifuula bona okubba ng'ekisibo eky'eŋamira, n'abaana ba Amoni okubba ng'ekifo embuli we gigalamira: kale mulimanya nga ninze Mukama.6Kubanga ati bw'atumula Mukama Katonda nti Kubanga okubbire mu ngalo, n'o samba n'ebigere, n'o sanyukira ku nsi ye Isiraeri n'e kyeju kyonakyona eky'omu meeme yo; 7bona, Kyenviire nkugololeraku omukono gwange, era ndikuwaayo okubba omunyago eri amawanga; era ndikuzikirirya mu mawanga, ne nkumalamu mu nsi egyo: ndikufaafaaganya; kale olimanya nga ninze Mukama.8Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Kubanga Mowaabu ne Seyiri batumula nti bona, enyumba ye Yuda efaanana amawanga gonagona; 9bona, kyendiva mbagulira abaana b'ebuvaisana oluuyi lwe Mowaabu okuva mu bibuga, okuva mu bibuga bye ebiri ku nsalo ye, ekitiibwa eky'ensi, Besuyesimosi, Baalumyoni, ne Kiriyasayimu, 10okutabaala abaana ba Amoni, era ndibawa okubba obutaka, abaana ba Amoni balekenga okwijukirwanga mu mawanga: 11era ndituukirirya emisango ku Mowaabu; kale balimanya nga ninze Mukama.12Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Kubanga Edomu akolere kubbiibi enyumba ya Yuda ng'a walana eigwanga, era ayonoonere inu era yeewalaniire eigwanga ku ibo; 13Mukama Katonda kyava atumula ati nti ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne mumalamu abantu n'ensolo: era ndigizikya okuva e Temani: okutuuka e Dedani baligwa n'e kitala.14Era nditeeka eigwanga lyange ku Edomu n'o mukono gw'a bantu bange Isiraeri; era balikolera mu Edomu ng'o busungu bwange bwe buli era ng'ekiruyi kyange bwe kiri: kale balimanya okuwalana kwange, bw'atumula Mukama Katonda.15Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Kubanga Abafirisuuti bakolere nga bawalana eigwanga, era bawalanire eigwanga emeeme yaabwe ng'eriku ekyeju, okugizikirirya n'o bulabe obutawaawo; 16Mukama Katonda kyava atumula ati nti bona, ndigololera ku Bafirisuuti omukono gwange, era ndimalawo Abakeresi, ni ndikirirya ekitundu ekifiikirewo eky'oku itale ly'e nyaza. 17Era ndiwalana ku ibo eigwanga eikulu nga mbanenya n'ekiruyi: kale balimanya nga ninze Mukama, bwe ndibateekaku eigwanga lyange.
1Awo olwatuukire mu mwaka ogw'eikumi n'e isatu ku lunaku olw'o luberyeberye olw'o mwezi ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Omwana w'o muntu, kubanga Tuulo atumwire ku Yerusaalemi nti siisiikya! oyo amenyekere eyabbanga omulyango ogw'a mawanga; akyukiire gye ndi: atyanu iye ng'amalire okuzikibwa nze ndigaigawala.3Mukama Katonda kyava atumula ati nti bona, ndi mulabe wo, iwe Tuulo, era ndikutabaalya amawanga mangi, ng'e nyanza bw'etabaala amayengo gaayo. 4Kale balizikirirya babbugwe b'e Tuulo, ni bamenyera dala ebigo bye: era ndimukolokotaku enfuufu ye, ni mufuula olwazi olwereere.5yabbanga kifo kyo kutegerangaku migonjo wakati mu nyanza: kubanga ninze nkitumwire, bw'atumula Mukama Katonda: era kyabbanga munyago gwa mawanga. 6N'a bawala be abali mu itale baliitibwa n'e kitala: kale balimanya nga ninze Mukama.7Kubanga Mukama Katonda bw'atumula ati nti bona, ndireeta ku Tuulo Nebukaduneeza kabaka w'e Babulooni; kabaka wa bakabaka, okuva obukiika obugooda, ng'alina embalaasi n'a magaali n'a beebagaire embalassi n'e kibiina n'abantu bangi. 8Aliita n'e kitala bawala bo abali mu itale era alikuzimbaku ebigo, n'a kutuumaku ekifunvu, n'akuyimusiryaku engabo.9Era alisimba ebintu bye ebitomera ku babugwe bo, era alimenyera dala ebigo byo n'e mpasa gye. 10Embalaasi gye kubanga giyingire obungi, enfuufu yaagyo erikubiikaku: babugwe bo balitengera olw'oluyoogaanu lw'abo abeebagala embalaasi n'e mpanka n'a magaali, bw'aliyingira mu miryango gyo, ng'a bantu bwe bayingira mu kibuga ekiwagwirwemu ekituli. 11Aniinirira enguudo gyo gyonagyona n'e binuulo by'e mbalaasi gye: aliita abantu bo n'e kitala, n'e mpango egy'a maani go giriika wansi.12Era balinyaga obugaiga bwo, n'e by'o buguli bwo balibifuula omuyigo: era balimenyera dala babbugwe bo, ne bazikirirya enyumba gyo egy'okwesiima: era baligalamirya amabbaale go n'e misaale gyo n'e nfuufu yo wakati mu maizi. 13Era ndikomya eidoboozi ery'e nyembo gyo: n'okuvuga kw'e nanga gyo tekuliwulirwa ate. 14Era ndikufuula olwazi olwereere: era wabbanga kifo kyo kutegerangaku migonjo: tolizimbibwa ate: kubanga ninze Mukama nkitumwire, bw'a tumula Mukama Katonda.15ati Mukama Katonda bw'akoba Tuulo nti ebizinga tebiritengera olw'o kubwatuka olw'okugwa kwo, abaliku ebiwundu bwe balisinda, ng'a baitira ekiwendo wakati mu iwe? 16Awo abalangira bonabonna ab'e nyanza baliva ku ntebe gyabwe, ni bambula ebivaalo byabwe, ni beetoolaku engoye gyabwe egy'e idalizi: balivaala okuteengera; balityama ku itakali nga batengera buli kaseera ne bakusamaalirira.17Era balitandika okukukungubagira ne bakukoba nti ng'o zikiriire, iwe eyatyamibwangamu abalu nyanza, ekibuga ekyayatiikiriire, ekyabbaire amaani ku nyanza, kyo n'abo abakityamamu, abaagwisyaku entiisya yaabwe ku abo bonabona abaagitambulirangamu! 18Atyanu ebizinga biritengera ku lunaku olw'o kugwa kwo: niiwo awo, ebizinga ebiri mu nyanza birikeŋentererwa olw'okwaba kwo.19Kubanga ati bw'atumula Mukama Katonda nti Bwe ndikufuula ekibuga ekyalekeibwewo, ng'e bibuga ebitatyamiibwemu; bwe ndi kuniinisyaku enyanza, amaizi amangi ni gakubiikaku; 20kale ndikutengerya wamu n'abo abaika mu biina, eri abantu ab'omu biseera eby'eira, era ndikutyamisya mu njuyi gy'ensi egya wansi, mu bifo ebyalekeibwewo obw'eira, wamu n'abo abaika mu biina, olekenga okutyamibwamu; era nditeeka ekitiibwa mu nsi ey'a balamu: 21ndikufuula entiisya, so tolibbaawo ate: waire nga bakusagira, naye tibaakubonenga ate enaku gyonagyona, bw'atumula Mukama Katonda.
1Ekigambo kya Mukama ne kingizira ate nga kitumula nti 2Wena, mwana w'o muntu, tandika okukungubagira Tuulo: 3okobe Tuulo nti ai we atyama awayingirirwa mu manyanza, omusuubuzi ow'a mawanga eri ebizinga ebingi, Ati bw'atumula Mukama Katonda nti iwe, ai Tuulo otumwire nti Nze natuukiriire mu busa.4Ensalo gyo giri mu mwoyo gw'e nyanza, abazimbi bo batuukiriirye obusa bwo. 5Embaawo gyo gyonagyona bagitoire mu miberozi egiva ku Seniri: batoole emivule ku Lebanooni okukukolera omulongooti.6Enkasi gyo bagikolere mu myera egya Basani: emanga gyo bagikozeserye masanga agawaayirwa mu nzo egyaaviire ku bizinga by'e Kttimu. 7Eitanga lyo lyabbaire lye bafuta eriku omulimu ogw'e idalizi ogwaviire e Misiri, libbe gy'oli ebendera: engoye egya kaniki n'e gy'e fulungu egyaviire ku bizinga bye erisa niigyo gyabbaire eitandaliwa lyo.8Abatyama mu Sidoni ne Aluvadi niibo babbaire abavugi bo: abagezigezi ibo baali mu niiwe, ai Tuulo, niibo babbaire ababbinga bo. 9Abakaire ba Gebali n'a bagezigezi baayo babbaire mu niiwe, nga niibo bakozi bo: ebyombo byonabyona eby'oku nyanza n'a balunyanza baabyo baabbanga mu niiwe okuwamba eby'o buguli bwo.10Obuperusi ne Ludi ne Puti baali mu igye lyo, abasaiza bo abalwani: bawanikanga mu iwe engabo n'enkoofiira: batendere obusa bwo. 11Abasaiza ab'e Yaluvadi wamu n'eigye lyo babbanga ku babugwe bo okwetooloola, n'Abagamada baabbanga mu bigo byo: baawanikanga engabo gyabwe ku babugwe bo okwetooloola: batuukiriirye obusa bwo.12Talusiisi niiye yabbanga omusuubuzi wo olw'obugaiga obw'engeri gyonagyona: bawangayo olw'obuguli bwo efeeza n'ebyoma n'a mabaati n'a masasi. 13Yavani, Tubali, ne Meseki, niibo babbaire abasuubuzi bo: baawanga emibiri gy'abantu n'e bintu eby'ebikomo olw'obuguli bwo.14Ab'o mu nyumba ya Togaluma baawangayo embalaasi n'embalaasi egy'entalo n'enyumbu olw'ebintu byo. 15Abasaiza ab'e Dedani niibo babbaire abasuubuzi bo: ebizinga bingi ebyabbaire akatale ak'omu mukono gwo: bakuleeteranga okuwaanyisya amasanga n'emitoogo.16Obusuuli yabbanga, musuubuli wo olw'o lufulube lw'emirimu gyo: baawangayo olw'e bintu byo amabbaale aga nawandagala n'olugoye olw'e fulungu n'o mulimu ogw'eidalizi ne bafuta ensa ne kolali n'a mabbaale amatwakaali, 17Yuda n'e nsi ye Isiraeri baabbanga basuubuzi bo: baawangayo olw'obuguli bwo eŋaanu ey'e Minisi n'eby'akaloosa n'o mubisi gw'e njoki n'amafuta n'e nvumbo. 18Damasiko yabbanga musuubuzi wo olw'o lufulube olw'e mirimu gyo, olw'olufulube lw'o bugaiga obw'engeri gyonagyona: n'omwenge ogw'e Keruboni n'ebyoya by'e ntama ebyeru.19Vedani ne Yavani baawangayo olw'e bintu byo enkosi: ekyoma ekimasamasa ne gasiya ne kalamo byabbanga mu buguli bwo. 20Dedani yabbanga musuubuli wo olw'e ngoye egy'o muwendo omungi egy'okwebagaliraku. 21Obuwalabu n’a balangira bonabona ab'e Kedali abo baabbanga basuubuzi bo mu mukono gwo: baabbanga basuubuzi bo olw'abaana b'e ntama n'e ntama enume n'embuli.22Abasuubuli ab'e Seeba ne Laama baabbanga basuubuli bo: baawangayo olw'ebintu byo eby'akaloosa ebisinga byonabyona n'a mabbaale gonagona ag'omuwendo omungi n'e zaabu. 23Kalani, ne Kane ne Edeni n'a basuubuzi ab'e Seeba ne Asuli, ne Kirunaadi baabbanga basuubuzi bo.24Abo niibo baabbanga abasuubuzi bo olw'ebintu ebironde, olw'e mitumba gya kaniki n'e mirimu egy'e idalizi, n’e sanduuku egy'ebivaalo egineekaneeka, egisibibwa n'e miguwa egikolebwa emivule, mu by'o buguli bwo. 25Ebyombo eby'e Talusiisi niibyo byakutambuliranga olw'o buguli bwo: era wagaigawaire n'obba we kitiibwa kinene mu mwoyo gw'e nyanza.26Abavugi bo bakuusirye awali amaizi amangi: omuyaga ogw'e buvaisana gukumenyere mu mwoyo gw'enyanza. 27Obugaiga bwo n'e bintu byo, obuguli bwo, abalunyanza bo, n'ababbinga bo, abakozi bo n'a bawamba obuguli bwo, N'abasaiza bo bonabona abalwani abaali mu iwe, wamu n'e kibiina kyo kyonakyona ekiri mu iwe wakati, baligwa mu mwoyo gw'e nyanza ku lunaku olw'okugwa kwo.28Olw'e idoboozi ery'okuleekaana kw'a babbinga bo, ebyalo ebirirainewo biritengera. 29N'abo bonabona abakwata enkasi, abalunyanza n'a babbinga bonabona ab'oku nyanza baliva mu byombo byabwe, balyemerera ku lukalu, 30era baliwulirya eidoboozi lyabwe, nga bakukungira, era baliira nga baliku obwinike, ni basuula enfuufu ku mitwe gyabwe, era balyekulukuunya mu ikoke.31era balikumwera ne beesiba ebinyakinyaki, era balikukungira amaliga emeeme gyabwe nga giriku obwinike, nga bawuubaala inu dala. 32Awo nga bakubba ebiwoobe balitandiika okukukungubagira ne bakukungubagira nga batumula nti yani afaanana Tuulo, afaanana oyo asirikibwa wakati mu nyanza? 33Ebintu byo bwe byavanga ku nyanza, waizulyanga amawanga mangi: wagaigawairye bakabaka b'ensi n’olufulube lw'o bugaiga bwo n'o lw'obuguli bwo.34Mu biseera enyanza bwe yakumenyere mu buliba obw'amaizi, obuguli bwo n'ekibiina kyo kyonakyona ne bigwa wakati mu iwe. 35Abo bonabona abali ku bizinga bakusamaaliririire, na bakabaka baabwe batiire inu dala, amaiso gaabwe geeraliikiriire. 36Abasuubuzi ab'omu mawanga bakunionsola; ofuukire entiisya, so toobbengawo ate enaku gyonagyona.
1Ekigambo kya Mukama ne kingizira ate nga kitumula nti 2Mwana w'o muntu, koba omulangira w’e Tuulo nti ati bw'atumula Mukama Katonda nti Kubanga omwoyo gwo gugulumiziibwe n'o tumula nti ninze katonda, ntyaime ku ntebe ya Katonda wakati mu nyanza: era naye oli muntu buntu so ti Katonda, waire nga wasimbire Omwoyo gwo ng'omwoyo gwa Katonda: 3bona, olina amagezi okusinga Danyeri; wabula kyama kye basobola okukugisa:4weefuniire obugaiga olw'a magezi go n'o kutegeera kwo, n'o funa ezaabu n'e feeza mu by'o bugaiga byo! 5oyongeire obugaiga bwo olw'a magezi go amangi n'o lw'o kusuubula kwo, n'o mwoyo gwo gugulumizibwa olw'o bugaiga bwo.6Mukama Katonda kyava atumula ati nti Kubanga osimbire Omwoyo gwo ng'o mwoyo gwa Katonda; 7bona, kyendiva nkuleetaku banaigwanga, ab'e ntiisya ab'o mu mawanga: kale balisowola ebitala byabwe okulwanisya obusa obw'a magezi go, era balyonoona okumasamasa kwo.8Balikwikya mu biina; era olifa ng'a ibo bwe bafiire abaitiirwe mu mwoyo gw'e nyanza. 9Olyeyongera ate okukobera mu maiso g'oyo akwita nti ninze Katonda? naye oli muntu buntu so ti Katonda mu mukono gw'oyo akusumita. 10Olifa ng'aibo bwe bafiire abatali bakomole n'o mukono gwa banaigwanga: kubanga nze nkitumwire, bw'atumula Mukama Katonda.11Era ate ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 12Mwana w'o muntu, tandika okukungubagira kabaka w'e Tuulo omukobe nti ati bw'atumula Mukama Katonda nti oteeka akabonero ku muwendo, ng'oizwire amagezi, ng'olingiriire obusa. 13Wabbaire mu Adeni olusuku lwa Katonda; buli ibbaale ery'o muwendo omungi lyabbanga ly'o kukubiikaku, sadio, topazi, ne alimasi, berulo, sokamu, ne yasepi, safiro, eibbaale erya nawandagala, ne kabunkulo, n'e zaabu: emirimu egy'ebitaasa byo n'e gy'e ndere gyo gyabbaire mu iwe; gyategekeibwe ku lunaku kwe watonderwe.14Wabbaire kerubi eyafukibwiiku amafuta abiikaku: era ninze nakusimbire n'o kubba n'o bba ku lusozi lwa Katonda olutukuvu; watambwire eruuyi n'e ruuyi wakati mu mabbaale ag'o musyo. 15Wabbaire ng'o tuukiriire mu mangira go okuva ku lunaku kwe watonderwe okutuusya obutali butuukirivu lwe bwabonekere mu iwe.16Bakwizwiirye wakati ekyeju olw'olufulube olw'o kusuubula kwo, n'oyonoona: kyenviire nkusuula nga nkutoola ku lusozi lwa Katonda nga nkulanga obwonoonefu; era nkuzikirirya, ai kerubi abiikaku, okuva wakati mu mabbaale ag'o musyo. 17Omwoyo gwo gwagulumiziibwe olw'o busa bwo, wakyamirye amagezi go olw'o kumasamasa kwo: nkuswire wansi, nkutaire mu maiso ga bakabaka, bakulingirire.18Wayonoonere ebifo by'o ebitukuvu olw'o lufulube olw'o butali butuukirivu bwo mu kusuubula kwo okutali kwa mazima; kyenviire ntoola omusyo wakati mu iwe, gukwokyerye, era nkufiire ikoke ku itakali mu maiso g'abo bonabona abakulingirira. 19Abo bonabona abakumaite mu mawanga balikwewuunya: ofuukire entiisya so toobbengawo ate enaku gyonagyona.20Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 21Mwana w'o muntu, simba amaiso go okwolekera Sidoni kiragule, 22otumule nti ati bw'atumula Mukama Katonda nti bona, nze ndi mulabe wo, ai Sidoni; era ndigulumizibwa wakati mu iwe: kale balimanya nga ninze Mukama, bwe ndimala okutuukiririrya mu ikyo emisango, ne ntukuzibwa mu ikyo23Kubanga ndiweererya mu ikyo kawumpuli n'o musaayi mu nguudo gyakyo; n'abaliku ebiwundu baligwa wakati mu ikyo, ekitala nga kikirumba enjuyi gyonagyona; kale balimanya nga ninze Mukama. 24Kale tewalibbaawo ate omufuwandizi ogusumita eri enyumba ya Isiraeri waire eiwa erinakuwalya ku abo bonabona ababeetooloire, abaabagiriranga ekyeju; kale balimanya nga ninze Mukama Katonda.25Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Bwe ndibba nga malire okukuŋaanya enyumba ya Isiraeri okubatoola mu mawanga, mwe baasaansaanyiziibwe, ne ntukuzibwa mu ibo mu maiso g'a mawanga, kale balityama mu nsi yaabwe gye nawaire omwidu wange Yakobo. 26Era balityama omwo mirembe; niiwo awo, balizimba enyumba ne basimba ensuku egy'e mizabbibu, ne batyama mirembe nga babulaku kye batya; bwe ndibba nga malire okutuukirirya emisango ku abo bonabona ababagiriire ekyeju ababeetooloire; kale balimanya nga ninze Mukama Katonda waabwe.
1Mu mwaka ogw'e ikumi mu mwezi ogw'e ikumi ku lunaku olw'o mwezi olw'e ikumi n'eibiri ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Mwana w'o muntu, simba amaiso go okwolekera Falaawo kabaka w’e Misiri omulagulireku no ku Misiri yonayona: 3tumula okobe nti ati bw'a tumula Mukama Katonda nti bona, ndi mulabe wo, Falaawo kabaka w’e Misiri, ogusota ogunene ogugalamira wakati mu mwiga gyagwo, ogutumwire nti omwiga gwange, gwange, era ngwekoleire nzenka.4Era nditeeka amalobo mu nsaya gyo, n'e byenyanza eby'o mu miiga gyo ndibikwataganya n'a magamba go; era ndikuniinisya okukutoola wakati mu miiga gyo, wamu n'e byenyanza byonabyona eby'o mu miiga gyo ebikwatagana n'a magamba go. 5Era ndikuleka ng'o suuliibwe mu idungu, iwe n'e byenyanza byonabyona eby'o mu miiga gyo: oligwa ku itale ewanza; tolikuŋaayizibwa so toliyoolebwa: nkuwaireyo okubba emere eri ensolo egy'o ku nsi n'eri enyonyi egy'omu ibbanga.6Kale bonabona abali mu Misiri balimanya nga ninze Mukama, kubanga baabbanga mwigo gwo lugada eri enyumba ya Isiraeri. 7Bwe bakukwata ku mukono, n'o menyeka n'o yasya ebibega byabwe byonabyona: era bwe beesigama ku iwe, n'o menyeka, n'o yemererya enkende gyabwe gyonagyona.8Mukama Katonda kyava atumula ati nti bona, ndikuleetaku ekitala, ni nkumalamu abantu n'e nsolo. 9N'e nsi y'e Misiri eribba matongo era nsiko; kale balimanya nga ninze Mukama: kubanga atumwire nti omwiga gwange, era ninze nagukolere. 10Kale, bona, nze ndi mulabe wo, era ndi mulabe w'e miiga gyo, era ndifuula ensi y'e Misiri ensiko enjereere n'a matongo, okuva ku kigo eky'e Sevene okutuuka n'o ku nsalo ey'e Buwesiyopya.11Tiwalibba kigere kyo muntu ekiribitamu so tiwalibba kigere kye nsolo ekiribitamu, so terityamibwamu emyaka ana. 12Era ndifuula ensi y'e Misiri amatongo wakati mu nsi gyalekeibwewo, n'e bibuga byayo mu bibuga ebizikibwa biribba matongo emyaka ana: era ndisaansaanirya Abamisiri mu mawanga ni mbataataaganyirya mu nsi nyingi.13Kubanga ati bw'atumula Mukama Katonda nti emyaka ana nga gibitirewo ndikuŋaanya Abamisiri okubatoola mu mawanga mwe baasaansaanyiziibwe: 14era ndiiryawo obusibe obw'e Misiri, ne mbairya mu nsi ey'e Pasulo, mu nsi mwe baazaaliirwe; era balibba eyo obwakabaka obwajeezeibwe.15Bulisinga obwakabaka bwonabwona okujeezebwa; so tibulyegulumizya ate ku mawanga: era ndibakendeerya, so tibalifuga ate mawanga. 16So tebulibba ate bwesige bwe nyumba ya Isiraeri, nga bwijukirya obutali butuukirivu, bwe bakebuka okubalingiriira; kale balimanya nga ninze Mukama Katonda.17Awo olwatuukire mu mwaka ogw'abiri mu musanvu mu mwezi ogw'oluberyeberye ku lunaku olw'omwezi olw'oluberyeberye ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 18Mwana w'o muntu, Nebukadduleeza kabaka we Babulooni yatabairye eigye lye olutabaalo olunene okulwanisya Tuulo: buli mutwe ne gubbaaku empata, na buli kibega ne kibambuka: era naye tiyabbaire n'e mpeera, waire egye lye okuva e Tuulo, olw'o lutabaalo lwe yakitabaire.19Mukama Katonda kyava atumula ati nti bona, ndiwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni ensi y'e Misiri; era alitwalira dala olufulube lw'a bantu baayo, n'a nyaga omunyago gwamu, n'a nyaga omuyiigo gwamu; era niiyo eribba empeera ey'eigye lye. 20Muwaire ensi y'e Misiri okubba empeera ye gye yatabaaliire, kubanga baakola omulimu gwange, bw'atumula Mukama Katonda.21Ku lunaku olwo ndimererya eiziga enyumba ya Isiraeri, era ndikuwa okwasama omunwa wakati mu ibo; kale balimanya nga ninze Mukama.
1Ekigambo kya Mukama ne kingizira ate nga kitumula nti 2Mwana w'o muntu, lagula otumule nti ati bw'atumula Mukama Katonda nti Muwowogane nti Gisangire olunaku! 3Kubanga olunaku luli kumpi, olunaku lwa Mukama niilwo luli okumpi, olunaku olw'ebireri; kiribba kiseera kya banaigwanga.4Era ekitala kiriniina ku Misiri, n'o bubalagali bulibba Buwesiyopya, abo abaititiibwe bwe baligwa mu Misiri; era balitoolawo olufulube lw'a bantu baamu, n'e misingi gyayo girimenyekera dala. 5Obuwesiyopya, ne Puti, ne Ludi, n'a bantu bonabona abaatabulwa, ne Kubu, n'a baana bonabona ab'e nsi eragaine, baligwa wamu nabo n'e kitala.6Ati bw'atumula Mukama nti Era n'abo abakwatirira Misiri baligwa, n'a malala ag'o buyinza bwayo galitengera: okuva ku kigo eky'e Sevene baligwa omwo n'e kitala, bw'atumula Mukama. 7Era balibba nga balekeibeewo wakati mu nsi egyalekeibwewo, n'ebibuga byayo biribba wakati mu bibuga ebyazikiibwe.8Kale balimanya nga ninze Mukama, bwe ndimala okukuma omusyo mu Misiri, n'ababeezi baayo bonabona nga bazikiriire: 9Ku lunaku olwo ababaka balitambula nga bava mu maiso gange nga baabirira mu byombo okutiisya Abesiyopya abeegolola; kale obubalagali bulibba ku ibo, nga ku lunaku lwe Misiri; kubanga, bona, lwiza.10Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Era ndikomya olufulube lw'a bantu be Misiri n'o mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni. 11iye n'abantu be awamu naye, ab'e ntiisya ab'o mu mawanga, baliyingiribwa okuzikirirya ensi; era balisowola ebitala byabwe okulwanisya Misiri, ne baizulya ensi abo abaitiibwe.12Era ndikalya emiiga, ne ntunda ensi mu mukono gw'a bantu ababbiibi; era ndirekesyaawo nsi ne byonabyona ebirimu n'o mukono gwa banaigwanga: nze Mukama nkitumwire.13Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Era ndizikirirya n'e bifaananyi, era ndimalamu esanamu mu Noofu; so tewalibba ate mulangira ava mu nsi y'e Misiri: era nditeeka entiisya mu nsi y'e Misiri. 14Era ndirekesyaawo Pasulo, ne nkuma omusyo mu Zowani, ni ntuukirirya emisango mu no.15Era ndifuka ekiruyi kyange ku Sini, ekigo kye Misiri; era ndimalawo olufulube olw'a bantu ba No. 16Era ndikuma omusyo mu Misiri; Sini kiribba n'obubalagali bungi, ne No kirimenyeka: ne Noofu kiribba n’abalabe emisana.17Abaisuka ba Aveni n'a be Pibesesi baligwa n'e kitala: n'ebibuga bino biryaba mu busibe. 18Era e Tekafunekeesi n’o musana gulyetoolawo, bwe ndimenyera eyo ejooko gye Misiri, n'amalala ag'obuyinza bwayo galiwaawo omwo: kyona ekireri kirikibiikaku, na bawala baakyo balyaba mu busibe. 19Ntyo bwe ndituukirirya emisango mu Misiri: kale balimanya nga ninze Mukama.20Awo olwatuukire mu mwaka ogw'e ikumi n'ogumu mu mwezi gw'o luberyeberye ku lunaku olw'omwezi olw'o musanvu ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 21Mwana w'o muntu, menyere omukono gwa Falaawo kabaka w'e Miisiri; era, bona, tigusibiibwe okusiigaku obulezi, okuteekaku ekiwero okugusiba, gubbe n'a maani okukwata ekitala.22Mukama Katonda kyava atumula ati nti bona, ndi mulabe wa Falaawo kabaka w'e Misiri, era ndimenya emukono gwe, ogw'a maani n'o gwo ogwamenyekere; era ndigwisya ekitala okuva mu mukono gwe. 23Era ndisaansaanirya Abamisiri mu mawanga, era ndibataataaganyirya mu nsi nyingi. 24Era ndinywezya emikono gya kabaka w'e Babulooni, ni nteeka ekitala kyange mu mukono gwe: naye ndimenya emikono gya Falaawo, kale alisindira mu maiso ge ng'o muntu afumitiibwe okufa bw'a sinda.25Era ndisitula emikono gya kabaka w'e Babulooni, n'e mikono gya Falaawo giriika; kale balimanya nga ninze Mukama, bwe nditeeka ekitala kyange mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, naye alikigololera ku nsi y'e Misiri. 26Era ndisaansaanirya Abamisiri mu mawanga ni mbataataaganirya mu nsi nyingi; kale balimanya nga ninze Mukama.
1Awo olwatuukire mu mwaka ogw'eikumi n'o gumu mu mwezi ogw'o kusatu ku lunaku olw'o mwezi olw'o luberyeberye ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Mwana w'o muntu, koba Falaawo kabaka w'e Misiri n'o lufulube lw'a bantu be nti ofaanana yani mu bukulu bwo?3Bona, Omwasuli yabbaire muvule ku Lebanooni ogw'amatabi amasa, era ogw'e kisaanikira eky'e kiwolyo, era muwanvu; n'o busongeryo bwe bwabbaire mu matabi amaziyivu. 4Amaizi gamuliisyanga; enyanza yamukulirye: emiiga gye gyakulukutire okwetooloola olusuku lwe; era yatuukirye ensalosalo gye eri emisaale gyonagyona egy'o mu itale.5Obuwanvu bwe kyegwaviire bugulumizibwa okusinga emisaale gyonagyona egy'o mu itale; n'amatabi ge ne gaala, ensibuka gye n'e gyaala, amatabi ge ne gawanvuwa olw'a maizi amangi, bwe yagaswire. 6Enyonyi gyonagyona egy'o mu ibbanga ni gizimba ebisu byagyo mu matabi ge, n'e nsolo gyonagyona egy'omu nsiko ne gizaalira abaana baagyo wansi w'a matabi ge, n'a mawanga gonagona amakulu ni gabba wansi w'e kiwolyo kye. 7Atyo n'abba musa mu bukulu bwe, olw'okuwanvuwa kw'a matabi ge: kubanga emizi gye gyabbaire awali amaizi amangi.8Emivule egy'o mu lusuku lwa Katonda tigyasoboire kumugisa: emiberoosi nga tigyekankana matabi ge, n'e myalamooni nga tigifaanana nsibuka gye: so nga wabula musaale mu lusuku lwa Katonda ogumwekankana obusa bwe. 9N'amufuula musa olw'o lufulube lw'a matabi ge: emisaale gyonagyona egy'omu Adeni egyabbaire mu lusuku lwa Katonda n'o kukwatibwa ni gimukwatirwa eiyali.10Mukama Katonda Kyeyaviire atumula ati nti Kubanga ogulumiziibwe obuwanvu, era ataire obusongeryo bwe mu matabi amaziyivu, n'o mwoyo gwe gusituliibwe olw'o bugulumivu bwe; 11okuwa ndimuwaayo mu mukono gw'o w'a maani ku mawanga; talireka kumubonererya: mubbingire olw'o bubbiibi bwe.12Era banaigwanga, ab'e ntiisya ab'omu mawanga, bamumalirewo, bamulekerewo: amatabi ge gagwire ku nsozi n'o mu biwonvu byonabyona, n'e nsibuko gye gimenyekeremenyekere ku nsalosalo gyonagyona egy'o mu nsi; n'a mawanga ag'omu nsi gaikire okuva mu kiwolyo kye, era bamulekerewo.13Enyonyi gyonagyona egy'omu ibbanga girityama ku bibye ebyagwire, n'e nsolo gyonagyona egy'o mu nsiko giribba ku matabi ge: 14waleke okubbaawo ku misaale gyonagyona egiri ku mbali kw'amaizi n'ogumu ogulyegulumizya olw'o buwanvu bwagyo, era gireke okuteeka obusongeryo bwagyo mu matabi amaziyivu, n'e gyagyo egy'a maani gireke okwemerera mu bugulumivu bwagyo, gyonagyona eginywa amaizi: kubanga gyonagyona giweereirweyo eri okufa, eri enjuyi egy'e nsi egya wansi, wakati mu baana b'a bantu, wamu n'abo abaika mu biina.15Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe yaikire mu magombe, naleeta ekiwuubaalo: namubiikira ku nyanza, ni nziyiza emiiga gyayo, n'a maizi amangi ni gemerezebwa: ne mpuubaalya Lebanooni ku lulwe, emisaale gyonagyona egy'o mu itale ni giyongobera ku lulwe.16Natengerya amawanga olw'e idoboozi ery'o kugwa kwe, bwe namuswire mu magombe wamu n'abo abaika mu biina: emisaale gyonagyona egy'omu Adeni, emironde egya Lebanooni egisinga obusa, gyonagyona eginywa amaizi, ni gisanyusibwa mu njuyi egy'ensi egya wansi.17Era gyona ni giika mu magombe wamu naye eri abo abaitibwe n'e kitala; niiwo awo, abo abaabbanga omukono gwe, abaatyamanga wansi w'e kiwolyo kye wakati mu mawanga. 18Ofaanana yani otyo ekitiibwa n'o bukulu mu misaale egy'o mu Adeni? era naye oliikibwa wamu n'e misaale egy'o mu Adeni mu njuyi egy'e nsi egye wansi: oligalamira wakati mu batali bakomole, wamu n'abo abaitibwe n'e kitala. Oyo niiye Falaawo n'o lufulube lw'a bantu be bonabona, bw'atumula Mukama Katonda.
1Awo olwatuukire mu mwaka ogw'e ikumi n'eibiri, mu mwezi ogw'e ikumi n'eibiri ku lunaku olw'o mwezi olw'o luberyeberye ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Mwana w'o muntu, tandika okukungubagira Falaawo kabaka w'e Misiri omukobe nti Wafaananyizibwe empologoma entonto ey'o mu mawanga: era naye oli ng'ogusota oguli mu nyanza; n'o waguza wamu n'emiiga gyo, n'o tabangula amaizi n'ebigere byo, n'o yonoona emiiga gyago:3Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Ndikusuulaku obutiimba gwange n'e kibiina eky'a mawanga amangi; era balikuvuba n'obutiimba bwange. 4Era ndikuleka ku lukalu ne nkusuula ku itale ewanza, ni nkutoolesyaaku enyonyi gyonagyona egy'omu ibbanga, wena ndikwikutya ensolo egy'o mu nsi gyonagyona bwe gyekankana.5Era nditeeka omubiri gwo ku nsozi ni ngizulya ebiwonvu obugulumivu bwo. 6Era ndifukirira ensi gy'o gweramu n'o musaayi gwo, okutuuka no ku nsozi; n'e nsalosalo girikwizula:7Awo bwe ndikumalawo, ndibiika ku igulu ne nfuula emunyeenye gyamu okubbaaki endikirirya; era ndibiika ekireri ku isana, so n'o mwezi tigulireeta kwaka kwagwo. 8Etabaaza gonagyona egy'o mu igulu egyakaayakana ndigireetaku endikirirya waigulu wo, ni nteeka endikirirya ku nsi yo, bw'atumula Mukama Katonda.9Era ndyeraliikirirya emyoyo gy'a mawanga amangi, bwe ndituusya okuzikirira kwo mu mawanga, mu nsi gy'otomanyanga. 10Niiwo awo, ndikusamaaliririrya amawanga mangi, na bakabaka baabwe balitya inu dala ku lulwo, bwe ndigalula ekitala kyange mu maiso gaabwe; era balitengera buli kaseera, buli muntu ng'atengerera obulamu bwe iye, ku lunaku olw'okugwa kwo.11Kubanga ati bw'atumula Mukama Katonda nti ekitala kya kabaka w'e Babulooni kirituuka ku iwe. 12Ndigwisya olufulube lwo n'ebitala eby'a b'a maani; bonabona be ntiisya bo mu mawanga: era balinyaga amalala ge Misiri, n'olufulube lwayo lwonalwona lulizikirizibwa.13Ndizikirirya ensolo gyayo gyonagyona okuva awali amaizi amangi; so n'ekigere ky'abantu tekirigatabangula ate, so n'ebinuulo eby'e nsolo tebirigatabangula. 14Kale kaisi ni ntangaalirya amaizi gaabwe, ni nkulukutya emiiiga gyabwe ng'a mafuta, bw'a tumula Mukama Katonda.15Bwe ndirekesyaawo ensi y'e Misiri ni ngizikya, ensi ebulamu ebyo bye yaizulanga, bwe ndisumita abo bonabona abalimu, kale Kaisi ni bamanya nga ninze Mukama. 16Kuno niikwo kukungubaga kwe balikungubaga; abawala ab'a mawanga balikungubaga batyo: balikungubagira Misiri n'o lufulube lwamu lwonalwona batyo, bw'atumula Mukama Katonda.17Era olwatuukire mu mwaka ogw'e ikumi n'eibiri ku lunaku olw'omwezi olw'e ikumi n'e itaanu ekigambo kya Mukama ni kingizira nga kitumula nti 18Mwana w'o muntu, kubbira ebiwoobe olufulube lw'e Misiri, obasuule wansi, iye n'abawala ab'amawanga agaayatiikiriire, mu njuyi egy'e nsi egye wansi, wamu n'abo abaika mu bwina.19Osinga yani obusa? serengeta oteekebwe wamu n'a batali bakomole: 20Baligwa wakati mu abo abaitibwa n'e kitala: aweweibweyo eri ekitala: mutoolewo n'olufulube lwe lwonalwona. 21Ab'a maani ab'o buyinza balitumula naye nga beema wakati, mu magombe wamu n'abo abamuyamba: baserengetere, bagalamiire, basirikire, abatali bakomole abaitibwa n'e kitala.22Asuli ali eyo n'ekibiina kye kyonakyona; amalaalo ge gamwetooloire: bonabona baitiibwe, bagwire n'e kitala: 23amalaalo gaabwe gateekeibwe mu njuyi egy'ebiina egikomererayo, n'ekibiina kye kyetooloire amagombe ge: bonabona baitiibwe bagwire n'e kitala, abaaleetanga entiisya mu nsi ey'a balamu.24Eriyo Eramu n'olufulube lwe lwonalwona nga beetooloire amagombe ge: bonabona baitiibwe, bagwire n'e kitala, abaitire nga ti bakomole mu njuyi egy'ensi egya wansi, abaaleetanga entiisya yaabwe mu nsi ey'abalamu, ni babbaaku ensoni gyabwe wamu n'abo abaika mu biina. 25Bamusimbiire ekitanda wakati mu abo abaitiibwe wamu n'o lufulube lwe lwonalwona amagombe ge gamwetooloire: bantu ti bakomole, abaitiibwe n'e kitala kubanga entiisya yaabwe yaleetebwa nga mu nsi ey'abalamu, ne babbaaku ensoni gyabwe wamu n'abo abaika mu biina: ateekeibwe wakati mu abo abaitiibwe.26Eriyo Meseki; Tubali, n'o lufulube lwe lwonalwona amagombe ge gamwetooloire: bonabonna abatali bakomole, abaitiibwe n'e kitala; kubanga baaleetanga entiisya yaabwe mu nsi ey'a balamu. 27So tebaligalamira wamu n'a b'a maani abagwire ku batali bakomole, abaitire mu magombe nga balina eby'o kulwanisya byabwe n'e bitala byabwe nga biteekeibwe ku mitwe gyabwe, n'o butali butuukirivu bwabwe buli ku magumba gaabwe; kubanga baabbanga ntiisya eri ab'a maani mu nsi ey'a balamu.28Naye olimenyekera wakati mu batali bakomole, era oligalamira wamu n'abo abaitiibwe n'e kitala. 29Eriyo Edomu, bakabaka be n'a bakungu be, abateekeibwe mu maani gaabwe awamu n'abo abaitiibwe n'e kitala: baligalamira n'a batali bakomole n'abo abaika mu biina.30Eriyo abalangira ab'o bukiika obugooda, bonabona, n'Abasidoni bonabona, abaikire n'abo abaitiibwe; waire nga baleetere entiisya olw'a maanyi gaabwe, bakwatiibwe ensoni; era bagalamiire nga ti bakomole wamu n'abo abaitiibwe n'ekitala, ne babbaaku ensoni gyabwe wamu n'abo abaika mu biina.31Falaawo alibabona, n'asanyusibwa olw'o lufulube lwe lwonalwona: Falaawo n'eigye lye lyonalyona abaitiibwe n'e kitala, bw'a tumula Mukama Katonda. 32Kubanga nteekere entiisya ye mu nsi ey'abalamu: era aliteekebwa wakati mu batali bakomole wamu n'abo abaitiibwe n'e kitala, iye Falaawo n'o lufulube lwe lwonalwona, bw'atumula Mukama Katonda.
1Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Mwana w'o muntu, tumula n'a baana b'a bantu bo obakobe nti Bwe ndeetanga ekitala ku nsi, abantu ab'o mu nsi bwe batoolanga omusaiza wakati mu ibo ne bamuteekawo okubba omukuumi waabwe: 3bw'abona ekitala nga kiiza ku nsi, oba nga afuuwa eikondeere n'alabula abantu; 4kale buli awulira okuvuga kw'e ikondeere n'atalabuka, ekitala bwe kiiza ne kimutoolawo, kale omusaayi gwe gwabbanga ku mutwe gwe iye.5Awuliira okuvuga kw'e ikondeere n'atalabuka; omusaayi gwe gwabbanga ku niiye: naye singa alabukire yandiwonyerye emeeme ye. 6Naye omukuumi bw'abonanga ekitala nga kiiza, n'atafuuwa ikondeere, abantu ni batalabulwa, ekitala ni kiiza, ni kitoola mu ibo omuntu yenayena; kale ng'atooleibwewo mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gw'o mukuumi.7Wena otyo, omwana w'o muntu, nkuteekerewo okubba omukuumi eri enyumba ya Isiraeri; kale, owuliranga ekigambo eri omunwa gwange, obawenga okulabula okuva gye ndi: 8Bwe nkobanga omubbiibbi nti Ai omubbiibi, tolireka kufa, n'otatumula kulabula omubbiibi okuva mu ngira ye; omuntu oyo omubbiibi alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo. 9Era naye bw'olabulanga omubbiibi engira ye okukyuka okugivaamu, n'atakyuka okuva mu ngira ye; alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye iwe ng'o wonyerye emeeme yo.10Wena, omwana w'o muntu, koba enyumba ya Isiraeri nti mutumula muti nti okusobya kwaisu n'o kwonoona kwaisu kuli ku niife, era tuyongoberera mu ikwo; kale twandibbaire tutya abalamu? 11Bakobe nti nga bwe ndi omulamu, bw'a tumula Mukama Katonda, mbula isanyu lye nsanyukira okufa kw'o mubbiibi: wabula omubbiibi akyuke ave mu ngira ye abbe omulamu: mukyuke, mukyuke okuva mu mangira ganyu amabbiibi; kubanga mutakira ki okufa, ai enyumba ya Isiraeri?12Wena, omwana w'o muntu, koba abaana b'abantu bo nti obutuukirivu obw'o mutuukirivu tibulimuwonyerya ku lunaku olw'okusobya kwe; n'o bubbiibi obw'o mubbiibi tibulimugwisya ku lunaku lw'a kyuka okuleka obubbiibi bwe: so n'oyo alina obutuukirivu talisobola kubba mulamu olw'obwo ku lunaku lw'ayonoona. 13Bwe nkoba omutuukirivu nga talireka kubba mulamu; bw'eyesiganga obutuukirivu bwe, n'akola obutali butuukirivu, tiwalibba ku bikolwa bye eby'o butuukirivu ebirijukirwa; naye mu butali butuukirivu bwe bw'akolere omwo mw'alifiira.14Ate bwe nkoba omubbiibi nti tolireka kufa; bweyakyukanga okuleka okwonoona kwe n'akola ebyo ebyalagiirwe eby'ensonga; 15omubbiibi bw'airyangayo omusingo, n'airyawo ekyo kye yanyagire, n'atambulira mu mateeka ag'obulamu, nga abulaku butali, butuukirivu bw'akola; talireka kubba mulamu, talifa. 16Tiwalibba ku bibbiibi bye bye yakolere ebiriijukirwa eri iye: akolere ebyo ebyalagiirwa eby'e nsonga; talireka kubba mulamu.17Era naye abaana b'a bantu bo batumula nti Engira ya Mukama tiyekankana: naye ibo engira yabwe niiyo etiyekankana. 18Omutuukirivu bw'a kyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola obutali butuukirivu, n'okufa alifiira omwo. 19Era omubbiibi bw'a kyukanga okuleka obubbiibi bwe n'akola ebyo ebyalagiirwe eby'e nsonga, alibba mulamu olw'ebyo. 20Era naye mutumula nti engira ya Mukama teyekankana. Ai enyumba ya Isiraeri, ndibasalira omusango buli muntu ng'a mangira ge bwe gali.21Awo olwatuukire mu mwaka ogw'eikumi n'eibiri ogw'o kusibibwa kwaisu, mu mwezi ogw'e ikumi ku lunaku olw'omwezi olw'okutaanu omumu eyabbaire awonere mu Yerusaalemi n'aiza gye ndi ng'a tumula nti Ekibuga kikubbiibwe. 22Awo omukono gwa Mukama gwabbaire nga gubbaire ku ninze akawungeezi, iye awonere nga kaali kwiza; era yabbaire ayasamirye omunwa gwange okutuusya lwe yaizire gye ndi amakeeri; omunwa gwange ni gwasama, ni ntabba kasiru ate.23Awo ekigambo kya Mukama ne kinvizira nga kitumula nti 24Mwana w'o muntu, abo abali mu bifo ebyo ebyazikire eby'o mu nsi ye Isiraeri batumula nti Ibulayimu yabbaire mumu, naye n'asikira ensi: naye ife tuli bangi; ensi etuweweibwe okubba obusika.25Kale obakobe nti Ati bw'a tumula Mukama Katonda nti mulya ekirimu omusaayi, ne muyimusya amaiso ganyu eri ebifaananyi byanyu ni muyiwa omusaayi, era mulirya ensi? 26Mwema ku kitala kyanyu, mukola eby'e mizizyo, ni mwonoona buli muntu mukali wa mwinaye: era mulirya ensi?27Oti bw'obba obakoba nti ati bw'a tumula Mukama Katonda nti nga bwe ndi omulamu, mazima abo abali mu bifo ebyazikire baligwa n'e kitala, n'oyo ali mu itale ewanza ndimuwaayo eri ensolo okuliibwa, n'abo abali mu bigo n'o mu mpuku balifa kawumpuli. 28Era ndifuula ensi okubba amatongo n'e kyewuunyo, n'amalala ag'o buyima bwayo galikoma; n'e nsozi gya Isiraeri girigisibwawo, omuntu yenayena aleke okubitamu. 29Kale Kaisi ni bamanya nga ninze Mukama, bwe ndibba nga nfiire ensi okubba amatongo n'e kyewuunyo olw'emizizyo gyabwe gyonagyona gye bakolere.30Wena, omwana w'o muntu, abaana b'a bantu ibo bakutumulaku awali ebisaakaate n'o mu miryango egy'e nyumba, ni bakobagana, buli muntu ng'a koba mugande we nti mwize, mbeegayiriire, muwulire ekigambo ekiviire eri Mukama. 31Ni baiza gy'oli ng'abantu bwe baizire, ne batyama mu maiso go ng'a bantu bange ni bawulira ebigambo byange naye ni batabikola: kubanga boolesya okutaka kungi n'o munwa gwabwe, naye omwoyo gwabwe gusengererya amagoba gaabwe.32Era, bona, oli gye bali ng'o lwembo olusa einu olw'omuntu alina eidoboozi erisanyusya einu, era amaani okukubba obusa enanga: kubanga bawulira ebigambo byo, naye ni batabikola. 33Awo ebyo bwe birituukirira (bona, biiza), kale kaisi ni bamanya nga nabbi abbaire mu ibo.
1Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kutumula nti 2Mwana w'o muntu, balagulireku abasumba ba Isiraeri, olagule obakobe, abasumba nti ati bw'atumula Mukama Katonda nti gibasangire abasumba ba Isiraeri abeeriisya bonka! abasumba tebandiriisirye ntama? 3Mulya masavu, ni muvaala ebyoya, ni mwita ebye isava; naye ni mutaliisya ntama.4Etesobola timugiteekangamu maani; so temuwonyanga erwaire, so timusibanga emenyekere, so timwiryangawo egobbingiibwe, so temusagiranga egotere; naye mwagifuganga N'a maani n'a mawagali. 5Ni gisaansaana olw'o butabbaawo musumba: ne gibba ky'o kulya era ensolo gyonagyona egy'o mu nsiko ni gisaansaana. 6Entama gyange gyabulubuutiire ku nsozi gyonagyona na ku buli kasozi akawanvu: Niiwo awo, entama gyange gyasaansaaniire ku maiso g'e nsi yonayona; so wabula eyagisaagiire waire okugibuulirirya.7Kale, imwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama: 8Nga bwe ndi omulamu, bw'a tumula Mukama Katonda, mazima kubanga entama gyange gyafuukire muyigo, era entama gyange gyafuukire ky'o kulya eri ensolo gyonagyona egy'o mu nsiko olw'o butabbaawo musumba, so n'abasumba bange tibasaagiire ntama gyange, naye abasumba ne beeriisya bonka ne bataliisya ntama gyange;9kale, imwe abasumba, muwulire ekigambo kya Mukama; 10Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Bona, ndi mulabe wa basumba; era ndivunaana entama gyange mu mukono gwabwe, ni mbalekesyayo okuliisya entama; so n'a basumba tebalyeriisya bonka ate; era ndiwonya entama gyange mu munwa gwabwe gireke okubba ekyokulya eri ibo.11Kubanga Mukama Katonda bw'atumula Ati nti bona, nze mwene, nze ndisagiira entama gyange, ne ngibuuliriirya. 12Ng'o musumba bw'a buulirirya ekisibo kye ku lunaku lw'abba mu ntama gye egisaansaine, ntyo bwe ndibuulirirya entama gyange; era ndigiwonya mu bifo byonabyona gye gyasaansaaniire ku lunaku olw'e bireri olw'e ndikirirya. 13Era ndigitoola mu mawanga, ni ngikuŋaanya okugitoola mu nsi nyingi, ni ngireeta mu nsi yaagyo igyo; era ndigiriisirya ku nsozi gya Isiraeri ku lubalama lw'e nsalosalo gy'a maizi n'o mu bifo byonabyona ebibbeerwamu eby'e nsi.14Ndigiriisya omwido omusa, era ku nsozi egy'e ntiiko ye Isiraeri niikwo kulibba ekisibo kyabwe: eyo gye girigalamira mu kisibo ekisa, ne giriira omwido omugimu ku nsozi gya Isiraeri. 15Nze mwene ndiriisya entama gyange ni ngigalamirya, bw'atumula Mukama Katonda. 16Ndisaagira egyo egigotere ne ngiryawo egyo egibbingiibwe ni nsiba egimenyekere ni nteekamu amaani mu egyo egirwaire: n'e by'e isava n'e by'a maani ndibizikirirya; ndibiriisya n'o musango.17Mwena, ekisibo kyange, ati bw'a tumula Mukama Katonda nti bona, nsala omusango ogw'e nsolo n'e nsolo, ogw'e ntama enume era n'e mbuli enume. 18Mukyeta kigambo kitono nga mwaliire omwido omusa, naye ne kibagwanira okuniinirira n'ebigere byanyu omwido gwanyu ogwafiikirewo? era nga mwanywire amaizi amateefu, naye ni kibagwanira okutabangula n'e bigere byanyu agafiikirewo? 19N'entama gyange girya ebyo bye muniiniriire n'e bigere byanyu, ne ginywa ago ge mutabangwire n'e bigere byanyu.20Mukama Katonda kyava abakoba ati nti Bona, nze, nze mwene, ndisala omusango ogw'e nsolo egya sava n'o gw'e nsolo enyondi. 21Kubanga musindikisya empete n'ebibega, ne mutomerya egirwaire gyonagyona amaziga ganyu okutuusya lwe mugisaansaanirya dala;22kyendiva mponya ekisibo kyange, so tigiribba ate muyiigo; nzena ndisala omusango ogw'e nsolo n'e nsolo. 23Era nditekawo ku igyo omusumba mumu, yena aligiriisya, omwidu wange Dawudi; niiye aligiriisya, era niiye alibba omusumba waagyo. 24Nzena Mukama ndibba Katonda waabwe, n'o mwidu wange Dawudi alibba mulangira mu ibo; ninze Mukama nkitumwire.25Era ndiragaana nabo Endagaanu ey'e mirembe, era ndikomya mu nsi ensolo embibbi: kale balityama mu idungu nga babulaku kye batya, ne bagonera mu bibira. 26Era ndibafuula omukisa n'e bifo ebyetooloire olusozi lwange; era nditonyesya olufumyagali mu ntuuko gyalwo; walibbaawo enfunyagali egy'omukisa. 27N'omusaale ogw'o mu itale gulibala ebibala byagwo, n'e itakali lirireeta ekyengera kyalyo, boona balibba mu nsi yaabwe nga babulaku kye batya; kale balimanya nga ninze Mukama, bwe ndibba nga malire okumenya ebisiba eby'ejooko yabwe, era nga mbawonyerye mu mukono gw'abo ababafiire abaidu.28So tibalibba muyiigo ate eri ab'a mawanga, so n'e nsolo ey'o mu nsi teribalya; naye balityama nga babulaku kye batya so tiwalibba alibatiisya. 29Era ndibayimusirya olusuku olw'o kwatiikirira, so tebalimalibwawo ate n'e njala mu nsi, so tebalibbaaku nsoni gya b'a mawanga ate.30Kale balimanya nga ninze Mukama Katonda waabwe ndi wamu nabo, era nga ibo, enyumba ya Isiraeri, niibo bantu bange, bw'atumula Mukama Katonda. 31Mwena, entama gyange, entama egy'o mu irisiryo lyange, muli bantu, nzena ndi Katonda wanyu, bw'atumula Mukama Katonda.
1Era ate ekigambo kya Mukama ni kingizira nga kitumula nti 2Mwana w'o muntu; simba amaiso go okwolekera olusozi Seyiri; olulagulireku 3olukobe nti ati bw'atumula Mukama Katonda nti bona, ndi mulabe wo, ai olusozi Seyiri; era ndikugololeraku omukono gwange, era ndikufuula okubba amatongo n'ekyewuunyo.465Kubanga wabbanga n'obulabe obutawaawo, n'owaayo abaana ba Isiraeri eri obuyinza obw'e kitala mu biseera mwe baboneire enaku, mu biseera eby'obutali butuukirivu obw'e nkomerero:n'o musaayi gulikucoca: kubanga tiwakyawire musaayi, amusaayi kyeguliva gukucoca. Ntyo ndifuula olusozi Seyiri okubba ekyewuunyo n'a matongo; era ndimalawo okwo oyo abitamu n'oyo airawo.7Ntyo ndifuula olusozi Seyiri okubba ekyewuunyo n'a matongo; era ndimalawo okwo oyo abitamu n'oyo airawo. 8Era ndiizulya ensozi gyayo abaayo abaitiibwe: abaitibwe n'e kitala baligwa ku nsozi gyo n'o mu biwonvu byo n'o mu nsalosalo gyo gyonagyona egy'a maizi. 9Ndifukuula amatongo agataliwaawo, so n'e bibuga byo tebirityamwamu: kale mulimanya nga ninze Mukama.10Kubanga watumwire nti Amawanga gano gombiri n'e nsi gino gyombiri biribba byange, fena tuligirya; naye Mukama yabbaire eyo: 11kale, nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama Katonda, ndikola ng'o busungu bwo bwe buli era ng'e iyali lyo bwe liri bwe walagire okuva mu kukyawa kwe wabakyawire; era ndyemanyisya mu ibo, bwe ndikusalira omusango.12Kale olimanya nga ninze Mukama mpuliire okuvoola kwo kwonakwona kwe wavoire eri ensozi gye Isiraeri, ng'o tumula nti Girekeibwewo, giweweibwe ife okugirya. 13Era mwanegulumiziiryeku n'o munwa gwanyu, era munyongeireku ebigambo byanyu: nze mpuliire.14Ati bw'atumula Mukama Katonda nti eitakali lyonalyona bwe lirisanyuka, ndikufuula iwe amatongo. 15Nga bwe wasanyukiire obusika obw'enyumba ya Isiraeri kubanga bwafuliibwe amatongo, ntyo bwe ndikukola iwe: olibba nga ofuuliibwe amatongo, ti lusozi Seyiri ne Edomu yonayona, bwe yekankana: kale balimanya nga ninze Mukama.
1Wena, mwana w'o muntu, lagula ensozi gya Isiraeri otumule nti niimwe ensozi gya Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama. 2ati bw'atumula Mukama Katonda nti Kubanga omulabe abatumwireku nti Siisikya! era nti ebifo ebigulumivu eby'eira byaisu, tubiriire: 3kale lagula otumule nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Kubanga, kubanga babalekeseryewo, era babaliire enjuyi gyonagyona, amawanga agafiikirewo gabalye, era musituliirwe mu minwa gy'a batumuli n'o mu bigambo ebibbiibi eby'a bantu:4kale, imwe ensozi gya Isiraeri, muwulire ekigambo kya Mukama Katonda; Ati Mukama Katonda bw'akoba ensozi n'o busozi, ensalosalo n'e biwonvu, amatongo agaazikire n'e bibuga ebyalekeibwewo, ebifuukire omuyiigo n'e ky'o kusekererwa eri amawanga agafiikirewo ageetooloire: 5Mukama Katonda kyava atumula ati nti Mazima ntumwire mu musyo ogw'e iyali lyange eri amawanga agafiikirewo n'eri Edomu yonanayona abeeteekeirewo ensi yange okugirya, omwoyo gwabwe gwonagwona nga gusanyukire, emeeme yaabwe ng'eriku ekyeju, okugisuula okubba omuyiigo: 6kale lagula eby'e nsi ye Isiraeri okobbe ensozi n'o busozi, ensalosalo n'e biwonvu, nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti bona, ntumulisirye iyali lyange n'ekiruyi kyange, kubanga mwabbangaku ensoni egy'a b'a mawanga:7Mukama Katonda kyava atumula ati nti nyimusirye omukono gwange nga ntumula nti Mazima ab'a mawanga agabeetooloire abo niibo balibbaaku ensoni gyabwe.8Naye imwe, ai ensozi gya Isiraeri, mulisuula amatabi ganyu, ni mubalira abantu bange Isiraeri ebibala byanyu; kubanga balikumpi okwiza. Kubanga, bona, nze ndi ku lwanyu, era ndikyukira gye muli, mwena mulirimibwa, mulisigibwa: 9Kubanga, bona, nze ndi ku lwanyu, era ndikyukira gye muli, mwena mulirimibwa, mulisigibwa:10era ndyalirya abantu ku imwe, enyumba yonayona eya Isiraeri, yonayona bwe yekankana n'e bibuga birityamibwamu n'a matongo galizimbibwa: 11era ndyalya ku imwe abantu n'e nsolo; era balyeyongera, balizaala: era ndibawa okutyamibwaku, nga mumalire okubba mutyo, era ndibakola kusa okusinga bwe nakolere mu kusooka kwanyu: kale mulimanya nga ninze Mukama. 12Niiwo awo, nditambulirya ku imwe abantu, abantu bange Isiraeri; era balikulya, wena olibba busika bwabwe, so tolibafiirirya ate abaana okuva watynu.13Ati bw'a tumula Mukama Katonda nti Kubanga babakobere nti iwe ensi, oli muli wa bantu, era waliisiryanga eigwanga lyo; 14kyoliva oleka okulya abantu ate, so tolifiikirya ate eigwanga lyo, bw'atumula Mukama Katonda; 15so tindikuganya ate okuwulira ensoni gy'a b'a mawanga, so tolibbaaku ate kuvumibwa kwa bantu, so tolyesitalya ate igwanga lyo, bw'a tumula Mukama Katonda.16Era ate ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 17Mwana w'o muntu, enyumba ya Isiraeri bwe batyamanga mu nsi yaabwe, bagyonoonere olw'e ngira yabwe n'o lw'e bikolwa byabwe: engira yabwe mu maiso gange yabbanga ng'o butali bulongoofu bwo mukali mu kweyawula kwe. 18Kyenaviire mbafukaku ekiruyi kyange, olw'omusaayi ibo gwe babbaire bafukire ku nsi, era kubanga babbaire bagyonoonere n'e bifaananyi byabwe:19ni mbasaansaanirya mu mawanga ni bataataaganira mu nsi nyingi: nabasaliire omusango ng'e ngira yabwe bwe yabbaire era ng'e bikolwa byabwe bwe byabbaire. 20Awo bwe baatuukire mu mawanga gye baabire, ni bavumisya eriina lyange eitukuvu; kubanga abantu babatumulangaku nti bano bantu ba Mukama, era baviire mu nsi ye. 21Naye ni nsaasira eriina lyange eitukuvu enyumba ya Isiraeri lye babbaire bavumisirye mu mawanga gye bayabire.22Kale koba enyumba ya Isiraeri nti ati bw'atumula Mukama Katonda nti tinkola kino ku lwanyu, ai enyumba ya Isiraeri, naye ku lw'e riina lyange eitukuvu lye muvumisirye mu mawanga gye mwayabire. 23Era nditukulya eriina lyange eikulu eryavumisiibwe mu mawanga, imwe lye muvumisirye wakati mu igo; kale amawanga galimanya nga ninze Mukama, bw'atumula Mukama Katonda, bwe nditukuzibwa mu imwe mu maiso gaabwe.24Kubanga ndibatoola mu mawanga, ni mbakuŋaanya okubatoola mu nsi gyonagyona, ni mbayingirya mu nsi yanyu imwe. 25Era ndibamansiryaku amaizi amasa, era mulibba balongoofu: ndibalongoosya mu mpitambibbi yanyu yonayona n'o mu bifaananyi byanyu byonabyona.26Era ndibawa n'omwoyo omuyaka, ni nteeka omwoyo omuyaka munda mu imwe: era nditoola omwoyo ogw'e ibbaale mu mubiri gwanyu ne mbawa omwoyo ogw'e nyama. 27Era nditeeka omwoyo gwange munda mu imwe, ni mbatambulirya mu mateeka gange, era mulikwata emisango gyange ne mugikola. 28Awo mwabbanga mu nsi gye nawaire bazeiza banyu; mwena mwabbanga bantu bange, nzena naabbanga Katonda wanyu.29Era ndibawonya mu butali bulongoofu bwanyu bwonabwona: era ndyeta eŋaanu, ne ngyalya, so tindibaleetaku njala. 30Era ndyalya ebibala eby'e misaale, n'e kyengera eky'o mu nimiro, mulekenga okuweebwa ate ekivumi eky'enjala mu mawanga. 31Kale Kaisi ni mwijukira amangira ganyu amabbiibi n'e bikolwa byanyu ebitali bisa; kale mulyetamwa mu maiso ganyu imwe olw'o butali butuukirivu bwanyu n'o lw'e mizizyo gyanyu.32tinkola kino ku lwanyu, bw'atumula Mukama Katonda, mukimanye: mukwatirwe ensoni amangira ganyu, muswale, ai enyumba ya Isiraeri. 33Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Ku lunaku lwe ndibanabiryaku obutali butuukirivu bwanyu bwonabwona, ndityamisya abantu mu bibuga, n’a matongo galizimbibwa 34N'e nsi eyalekebwangawo eririmibwa, naye yabbanga nsiko mu maiso g'abo bonabona ababitirewo.35Kale balitumula nti ensi eno eyalekebwangawo efuukire ng'o lusuku Adeni; n'ebibuga ebyazikire ebyalekeibwewo ebyagwire bikoleibweku enkomera, abantu ne babityamamu. 36Kale amawanga agasigaire okubeetooloola kaisi ni gamanya nga ninze Mukama nzimbire ebifo ebyagwire ni nsimba ekyo ekyalekeibwewo: ninze Mukama nkitumwire, nzena ndikikola.37Ati bw'atumula Mukama Katonda nti era agitaka enyumba ya Isiraeri okumbuulyanga ekyo okukibakolera; ndibongeryaku abantu ng'e kisibo. 38Ng'e kisibo ekya sadaaka, ng'ekisibo ekye Yerusaalemi mu mbaga gyakyo gyalagiirwe; ebibuga ebyazikire bwe birizula bityo ebisibo eby'a bantu: kale balimanya nga ninze Mukama.
1Omukono gwa Mukama gwabbaire ku nze, n'a ntwala n'a nfulumirya mu mwoyo gwa Mukama, n'a njikya wakati mu kiwonvu; kale nga kiizwire amagumba; 2n'a gambityaku okugeetooloola: kale, bona, nga mangi inu mu kiwonvu mu ibbanga; era, bona, makalu inu. 3N'ankoba nti mwana w'o muntu, amagumba gano gasobola okubba amalamu? Ni ngiramu nti Ai Mukama Katonda, niiwe omaite.4N'ankoba ate nti Lagulira ku magumba gano ogakobe nti Ai imwe amagumba amakalu, muwulire ekigambo kya Mukama. 5Ati Mukama Katonda bw'akoba amagumba gano nti bona, ndiyingirya omwoka mu imwe; kale mulibba balamu: 6Era ndibateekaku ebinywa, era ndireeta enyama ku imwe, ni mbabiikaku oluwu, ni mbateekamu omwoka, kale mulimanya nga ninze Mukama.7Awo ni ndagula nga bwe nalagiirwe: awo bwe nabbaire nga ndagula, ni wabbaawo eidoboozi, era, bona, ekikankano ky'e nsi, amagumba ni geegaita buli igumba n'e igumba liinalyo. 8Awo ni moga, era, bona, nga kuliku ebinywa, omubiri ni gwiza, eidiba ne ligabiikaku waigulu: naye nga mubula mwoka mu igo.9Awo n'a nkoba nti Lagula empewo, lagula, omwana w'o muntu, okobe empewo nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti iza okuva eri empewo eina, ai omoka, ofuuwe ku bano abaitibwe, babbe abalamu. 10Awo ni ndagula nga bwe yandagiire, omwoka ni gubayingira, ni babba balamu, ne beemerera ku bigere byabwe, eigye lingi inu.11Awo n'ankoba nti mwana w'o muntu, amagumba gano niiyo nyumba yonayona eya Isiraeri: bona, batumula nti Amagumba gaisu gakalire, n'e isuubi lyaisu ligotere; tumaliibwewo dala. 12Kale lagula okobe nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti bona, ndyasamya amagombe ganyu, ni mbaniinisya okuva mu magombe ganyu, ai abantu bange: era ndibayingirya mu nsi ya Isiraeri.13Kale mulimanya nga ninze Mukama, bwe ndibba nga njasamirye amagombe ganyu, ni mbaniinisya okuva mu magombe ganyu, ai abantu bange. 14Era nditeeka omwoyo gwange mu imwe, era mulibba balamu, era ndibateeka mu nsi yanyu imwe: kale mulimanya nga ninze Mukama ntumwire, era n'okutuukirirya ne nkituukirirya, bw'atumula Mukama.15Ekigambo kya Mukama ni kingizira ate nga kitumula 16Wena, mwana w'o muntu, irira omwigo gumu, oguwandiikeku nti gwa Yuda, era gwa baana ba Isiraeri bainaye: kaisi oirire omwigo ogundi oguwandiikeku nti Gwa Yusufu, omwigo gwa Efulayimu, era gwe nyumba yonayona eye Isiraeri bainaye: 17kale ogyegaitire gyombiri okubba omwigo ogumu, gibbe gumu mu mukono gwo.18Awo abaana b'a bantu bo bwe balitumula naiwe nga bakoba nti Tootunyonyole makulu bwe gali g'oleeta na gino? 19n'obakoba nti ati bw'atumula Mukama Katonda nti Bona, ndiririra omwigo gwa Yusufu, oguli mu mukono gwa Efulayimu, n'ebika bya Isiraeri bainaye; era ndibateeka wamu nagwo, wamu n'o mwigo gwa Yuda, ne mbafuula omwigo gumu, kale ne babba gumu mu mukono gwange. 20N'e miigo gy'o wandiikireku giribba mu mukono gwo mu maiso gaabwe.21N'obakoba nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti bona, nditoola abaana ba Isiraeri wakati mu mawanga, gye baabire, ni mbakuŋaanirya enjuyi gyonagyona, ni mbaleeta mu nsi yaabwe ibo: 22kale ndibafuula eigwanga erimu mu nsi ku nsozi gya Isiraeri; era kabaka omumu niiye alibba kabaka waabwe bonabona: so tebalyawulibwa ate okubba obwakabaka bubiri n'akadiidiiri: 23so tibalyeyonoona ate n'e bifaananyi byabwe waire n'e bintu byabwe eby'e mizizyo waire n'okusobya kwabwe kwonakwona: naye ndibalokola okuva mu nyumba gyabwe gyonana, mwe bakoleranga ebibbiibi, ni mbalongoosya: kale batyo baabbanga bantu bange, nzena nabbanga Katonda waabwe.24N'o mwidu wange Dawudi niiye alibba kabaka waabwe; era bonabona balibba n'o musumba mumu: era n'okutambuba balitambulira mu misango gyange ni bakwata amateeka gange ni bagakola. 25Era balibba mu nsi gye nawaire Yakobo omwidu wange bazeiza banyu babbe kale balibba omwo, ibo n'abaana baabwe n'abaana b'abaana baabwe emirembe gyonagyona: era Dawudi omwidu wange niiye yabbanga omulangira waabwe emirembe gyonagyona.26Era ate ndiragaana nabo endagaanu ey'e mirembe, yabbanga ndagaani eteriwaawo gye bali: era ndibateekawo ni mbairya, era nditeeka awatukuvu wange wakati mu ibo emirembe gyonagyona. 27Era n'e weema yange yabbanga nabo: nzena naabbanga Katonda waabwe, boona babbanga bantu bange. 28Kale amawanga galimanya nga ninze Mukama atukwiirye Isiraeri, awatukuvu wange bwe waabbanga wakati mu ibo emirembe gyonagyona.
1Awo ekigambo kya Mukama ne kingizira nga kitumula nti 2Mwana w'o muntu, simba amaiso go okwolekera Googi ow'o mu nsi ye Magoogi, omulangira we Loosi, Meseki, ne Tubali, omulagulireku 3otumule nti ati bw'atumula Mukama Katonda nti bona, ndi mulabe wo, ai Googi, omulangira we Loosi, Meseki, ne Tubali:4era ndikwiryayo, ne nteeka amalobo mu nsaya gyo, era ndikufulumya n'e igye lyo lyonalyona, embalaasi n'a basaiza abeebagaire embalaasi, bonabona nga bavaire ebyokulwanisya ebyatuukiriire, ekibiina ekinene, nga balina obugabo n'e ngabo, bonabona nga bakwaite ebitala: 5Obuperusi, Kuusi, ne Puti nga bali nabo; bonabona nga balina engabo n'enkoofiira: 6Gomeri n'e igye lye lyonalyona; enyumba ya Togaluma, mu njuyi egy'e nsi egikomererayo; n'eigye lye lyonalyona: amawanga mangi nga gali naiwe.7Bba nga weeteekereteekere, Niiwo awo, weetegeke, iwe n'e bibiina byo byonabyona abakuŋaaniire gy'oli, obbe omugabe gye bali. 8Enaku nyingi nga gibitirewo oliizirwa: mu myaka egy'e nkomerero olireetebwa mu nsi ekomezebwewo okugiizira mu kitala, ekuŋaanyizibwa okuva mu mawanga amangi, ku nsozi gye Isiraeri, egyabbanga ensiko etevaawo: naye etoolebwa mu mawanga, era balityama nga babulaku kye batya, bonabona. 9Kale olyambuka oliiza nga empunga, olibba ng'e kireri okubiika ku nsi, iwe n'e igye lyo lyonalyona n'amawanga mangi nga gali naiwe.10Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Olulituuka ku lunaku olwo ebigambo biriiza mu mwoyo gwo, era olisala olukwe olubbiibi: 11kale olitumula nti ndyambuka mu nsi ey'e byalo ebibulaku nkomera; ndyaaba eri abo abeegoire, abatyama nga babulaku kye batya, bonabona nga babba awo awabula babugwe so nga babula bisiba waire enjigi: 12okunyaga omunyago n'okunyaga omuyiigo; okukyusirya omukono gwo ku bifo eby'e nsiko ebityamibwamu atyanu, n'a bantu abakuŋaanyizibwa okuva mu mawanga, abafunire ebisibo n'e bintu, ababba wakati w'e nsi gyonagyona.13Seeba ne Dedani n'a basuubuzi ab'e Talusiisi, wamu n'e mpologoma entonto gyayo gyonagyona, balikukoba nti oizire kunyaga munyago? okuŋaanyirye ekibiina kyo kunyaga muyiigo? okutwalira dala efeeza n'e zaabu, okutwalira dala ensolo n'e bintu, okunyaga omunyago mungi?14Kale, mwana w'o muntu, lagula okobe Googi nti ati bw'atumula Mukama Katonda nti ku lunaku olwo abantu bange Isiraeri lwe balityama nga babulaku kye batya, tolikimanya? 15Kale oliiza ng'ova mu kifo kyo mu njuyi egy'o bukiika obugooda egikomererayo, iwe n'a mawanga mangi wamu naiwe, bonabona nga beebagaire embalaasi, ekibiina kinene, era eigye inene: 16era olitabaala abantu bange Isiraeri, ng'e kireri okubiika ku nsi; olulituuka mu naku egy'o luvanyuma ndikutabaalya ensi yange, amawanga gakumanye, bwe nditukuzibwa mu iwe, ai Googi, mu maiso gaabwe.17Ati bw'atumula Mukama Katonda nti niiwe oyo gwe natumwireku eira mu baidu bange banabbi ba Isiraeri, abaalaguliranga emyaka emingi mu naku egyo nga ndikusindika okubatabaala ibo? 18Awo olulituuka ku lunaku olwo Googi bw'alitabaala ensi ye Isiraeri, bw'atumula Mukama Katonda, ekiruyi kyange kiriniina mu nyindo gyange.19Kubanga ntumulisirye eiyali lyange n'o musyo ogw'obusungu bwange nti Mazima ku lunaku olwo mu nsi ye Isiraeri mulibbaamu okutengera okunene; 20ebyenyanza ebiri mu Nyanza, n'e nyonyi egy'omu ibbanga, n'e nsolo egy'o mu nsiko, n'e bintu byonabyona, ebyewalula ebyewalula ku itakali, n'abantu bonabona abali ku maiso g'e nsi n'o kutengera balitengerera okwiza kwange, n'e nsozi girisuulibwa, n'amabbanga galigwa, na buli bugwe aligwa wansi.21Awo ensozi gyange gonagyona ndigyetera ekitala okumulwanisya, bw'atumula Mukama Katonda: ekitala kya buli muntu kirirwana n'o mugande we. 22Era ndiwozya naye no kawumpuli n'o musaayi; era ndimutonyesyaku n'o ku igye lye n'o ku mawanga amangi agali naye olufunyagali olwanjaala n'a mabbaale amanene ag'omuzira n'o musyo n'e kibiriiti. 23Era ndyegulumirya ni neetukulya, era ndyemanyisya mu maiso g'a mawanga amangi; kale balimanya nga ninze Mukama.
1Wena, mwana w'o muntu, mulagulireku Googi otumule nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti bona, ndi mulabe wo, ai Googi, omulangira we Loosi, Meseki, ne Tubali: 2era ndikwiryayo, ni nkutwala mu maiso ne nkuniinisya okuva mu njuyi egy'o bukiika obugooda egikomererayo; ne nkutuusya ku nsozi gy'e Isiraeri: 3era ndikubba omutego gwo ni ngutoola mu mukono gwo omugooda, ni ngwisa obusaale bwo mu mukono gwo omulyo.4Oligwa ku nsozi gye Isiraeri, iwe n'e igye lyo lyonalyona n'a mawanga agali na iwe: ndikuwaayo eri enyonyi egy'a mairu egy'e ngeri gyonagyona n'eri ensolo egy'o mu nsiko okuliibwa. 5Oligwa ku itale mu ibbanga: kubanga nze nkitumwire, bw'atumula Mukama Katonda. 6Era ndiweererya omusyo ku Magogi, n'o ku abo abatyama ku bizinga nga babulaku kye batya: kale balimanya nga ninze Mukama.7Era ndimanyisya eriina lyange eitukuvu wakati mu bantu bange Isiraeri; so tindiganya eriina lyange eitukuvu okulivuma ate: kale amawanga galimanya nga ninze Mukama, Omutukuvu mu Isiraeri. 8Bona, kiiza, era kirikolebwa, bw'atumula Mukama Katonda; luno niilwo lunaku lwe natumwireku.9N'abo abatyama mu bibuga by'e Isiraeri balifuluma, ni babiteekaku omusyo ebyokulwanisya, engabo era n'o bugabo, emitego n'o busaale, n'e miigo egy'o mu mukono n'a masimu, balibibiikiryaku omusyo emyaka musanvu: 10n'o kutyaba ne batatyaba enku mu itale so tibaliteka nku gyonagyona mu kibira; kubanga balibiteekaku omusyo ebyokulwanisya: era balinyaga abo abaabanyaganga, era balibatoolaku abo abatoolangaku, bw'a tumula Mukama Katonda.11Awo olulituuka ku lunaku olwo ndiwa Googi ekifo eky'okuziikamu mu Isiraeri, ekiwonvu ky'abo ababitiremu ku luuyi olw'e nyanza olw'ebuvaisana: era kiriziyizya abo ababitamu: era baliziika eyo Googi n'o lufulube lwe lwonalwona: kale balikyeta nti Kiwonvu Kamonugoogi.12Era enyumba ya Isiraeri balimala emyezi musanvu nga babaziika, balongoosye ensi. 13Niiwo awo, abantu bonabona ab'omu nsi balibaziika; era kiribba kya watyanu gye bali ku lunaku lwe ndigulumizibwa, bw'atumula Mukama Katonda.14Era balyawulamu abasaiza okubba n'o mulimu ogw'o lutalekula, ababitanga mu nsi okuziika abo abalibitamu, abalisigala ku maiso g'e nsi, okugirongoosya: emyezi musanvu nga giweireku balisagira. 15N'a bo ababita mu nsi balibitamu; awo omuntu yenayena bw'e yabonanga eigumba ly'o muntu, kale yasimbangaku akabonero, okutuusya abaziiki lwe baliziika mu kiwonvu Kamonugoogi. 16Era walibbaawo ekibuga ekiryetebwa Kamona. Batyo bwe balirongoosya ensi.17Wena, omwana w'o muntu, Ati bw'atumula Mukama Katonda nti tumula n'e nyonyi egy'e ngeri gyonagyona na buli nsolo ey'o mu nsiko nti Mukuŋaane mwize; mukuŋaane enjuyi gyonagyona eri sadaaka yange gye mbaweerayo, sadaaka enene ku nsozi gye Isiraeri, mulye enyama, munywe omusaayi. 18Mulirya enyama ey'a b'a maani, ni munywa omusaayi gw'a balangira ab'e nsi, ogw'e ntama enume n'o gw'a baana b'e ntama n'o gw'e mbuli, n'o gw'e nte enume, gyonagyona gye sava egye Basani.19Era mulina amasavu ni mwikuta, ni munywa omusaayi ni mutamiira, ku sadaaka yange gye mbaweereireyo. 20Era mulikutira mu idiiro lyange embalaasi n'a magaali, abasaiza ab'a maani n'a basaiza bonabona abalwani, bw'atumula Mukama Katonda.21Era nditeeka ekitiibwa kyange mu mawanga, n'a mawanga gonagona galibona omusango gwange gwe ntuukiriurye, n'o mukono gwange gwe mbatekereku. 22Kale enyumba ya Isiraeri balimanya nga ninze Mukama Katonda waabwe okuva ku lunaku olwo n'o kweyongerayo.23N'a mawanga galimanya ng'e nyumba ya Isiraeri baabire mu busibe olw'o butali butuukirivu bwabwe; kubanga bansoberye ni mbagisa amaiso gange: kale ni mbawaayo mu mukono gw'a balabe baabwe, ni bagwa bonabona n'e kitala. 24Ng'o butali bulongoofu bwabwe bwe bwabbaire era ng'okusobya kwabwe bwe kwabbaire, ntyo bwe nabakolere; ne mbagisa amaiso gange.25Mukama Katonda kyava atumula Ati nti Atyanu nairyawo obusibe bwa Yakobo, ne nsaasira enyumba yonayona eya Isiraeri; era ndikwatirwa eriina lyange eitukuvu buyaaka. 26Era balibbaaku ensoni gyabwe n'o kusobya kwabwe kwonakwona kwe bansobya, bwe balityama mu nsi yaabwe nga babulaku kye batya, so nga wabula alibatiisya; 27bwe ndibba nga mbairiryewo okubatoola mu mawanga, era nga mbakuŋaanyirye okuva mu nsi egy'abalabe baabwe, era nga ntukuzibwa mu ibo mu maiso g'a mawanga mangi.28Kale balimanya nga ninze Mukama Katonda waabwe, kubanga nabasiindikire mu busibe mu mawanga, era nga mbakuŋaanyirye mu nsi yaabwe ibo; so tindireka ate n'o mumu ku ibo okubba eyo; 29so tindibagisa ate maiso gange: kubanga nfukire omwoyo gwange ku nyumba y'e Isiraeri; bw'atumula Mukama Katonda.
1Mu mwaka ogw'abiri n'e itaanu ogw'okusibibwa kwaisu omwaka nga gwakaiza gutandike ku lunaku olw'e ikumi olw'o mwezi mu mwaka ogw'e ikumi n'e ina ekibuga nga kimalire okumenyebwa, ku lunaku olwo omukono gwa Mukama ne gubba ku nze, n'a ntwalayo. 2N'antwala mu nsi ye Isiraeri mu kwolesebwa kwa Katonda, n'anjikya ku lusozi oluwanvu einu, okwabbaire ng'embala y'e kibuga ku bukiika obulyo.3N'antwalayo, kale, bona, nga waliwo omusaiza; enfaanana ye ng'enfaanana ey'e kikomo, ng'alina omuguwa ogw'e nkosi mu mukono gwe n'o lugada olupima; n'ayemerera mu mulyango. 4Omusaiza oyo n'ankoba nti mwana w'o muntu linga n'a maiso go, owulire n'amatu go, oteeke omwoyo gwo ku byonabyona bye naakulagire; kubanga kyoviire oleetebwa wano kaisi mbikulage: byonabyona bye wabona obikoberenga enyumba ya Isiraeri.5Awo, bona, ekisenge ewanza w'e nyumba okwetooloola, n'o mu mukono gw'o musaiza nga mulimu olugada olugera, obuwanvu bwalwo emikono mukaaga, buli mukono mukono oluta: awo n'agera obugazi bw'e nyumba, olugada lumu; n'o bugulumivu olugada lumu: 6Awo n'a iza eri omulyango ogulingirira ebuvaisana, n'a niina ku madaala gaagwo; n'agera awemererwa ow'o mulyango, obugazi bwawo olugada lumu: n'awemerewa awandi, obugazi bwawo olugada lumu. 7Na buli nyumba obuwanvu bwayo olugada lumu n'o bugazi bwayo olugada lumu; ne wakati w'amayu emikono itaanu; n'a wayingirirwa aw'o mulyango awali ekisasi eky'oku mulyango okwolekera enyumba, waaliwo olugada lumu.8Era n'agera n'e kisasi eky'o ku mulyango okwolekera enyumba, olugada lumu. 9Awo n'agera ekisasi eky'oku mulyango, emikono munaana; n'e mifuubeeto gyamu, emikono ibiri; n'e kisasi eky'oku mulyango kyayolekeire enyumba. 10N'a mayu ag'oku mulyango ebuvaisana gabbaire asatu eruuyi n'a satu eruuyi; ago gonsatu g'e kigera kimu n'e mifuubeeto gyabbaire ekigera kimu eruuyi n'e ruuyi11Era n'agera awayingirirwa mu mulyango obugazi bwawo, emikono ikumi; n'o buwanvu bw'o mulyango emikono ikumi n'e isatu; 12n'eibbanga eryabbaire mu maiso g'a mayu, omukono gumu eruuyi, n'e ibbanga omukono gumu eruuyi; n'a mayu emikono mukaaga eruuyi n'e mikono mukaaga eruuyi. 13N'agera omulyango okuva ku nyumba waigulu okutuuka ku nyumba ginaaye waigulu, obugazi emikono abiri na itaanu; olwigi nga lwolekera olwigi.14Era n'akola n'emifuubeeto, emikono enkaaga; n'o luya lwatuukire ku mufuubeeto, omulyango nga gwetooloola. 15N'okuva ku bweni bw'o mulyango awayingirirwa okutuuka ku bweni obw'ekisasi eky'o munda eky'o ku mulyango gyabbaire emikono ataanu. 16Era amayu gabbaireku ebituli ebyazibiibwe, n'e mifuubeeto gyago egyabbire munda w'o mulyango enjuyi gyonagyona, era n'ebizizi bityo byabbaireku ebituli: era munda mwabbairemu ebituli okwetooloola: na ku buli mufuubeeto kwabbaireku enkindu.17Awo n'a ntwala mu luya olw'e wanza, era, bona, nga waaliwo ebisenge n'a mabbaale amaalirire, ebyakoleirwe oluya okwetooloola: ebisenge abiri byabbaire ku mabbaale ago amaalirire. 18N'amabbaale amaalirire gaali ku mbali kw'e miryango, okwekankana n'o buwanvu obw'e miryango, niigo mabbaale amaalirire age wansi. 19Awo n'agera obugazi okuva ku bweni obw'o mulyango ogwa wansi okutuuka ku bweni obw'o luya olw'o munda ewanza, emikono kikumi, ebuvaisana n'o bukiika obugooda:20N'o mulyango ogw'o luya olw'e wanza ogulingirira obukiika obugooda n'agera obuwanvu bwagwo n'o bugazi bwagwo: 21N'a mayu gaaku gabbaire asatu eruuyi n'a satu eruuyi; n'emifuubeeto gyaku n'ebizizi byaku byabbaire ng'ekigera eky'o mulyango ogw'o luberyeberye: obuwanvu bwagwo emikono ataanu, n'o bugazi emikono abiri na itaano.22N'e bituli byagwo n'e bizizi byagwo n'e nkindu gyagwo, byabbaire ng'ekigera eky'o mulyango ogulingirira ebuvaisana; era bagunirangamu ku madaala musanvu; n'ebizizi byagwo byabbaire mu maiso gaago. 23Era oluya olw'o munda lwabbaireku omulyango ogwolekera omulyango ogundi, obukiika obugooda era n'e buvaisana; n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango emikono kikumi.24Awo n'a ntwala obukiika obulyo, kale, bona, omulyango obukiika obulyo: n'agera emifuubeeto gyagwo n'e bizizi byagwo ng'ebigera ebyo bwe biri. 25Era kwabbaireku amadirisa ku igwo n'o ku bizizi byagwo enjuyi gyonagyona ebifaanana amadirisa ago: obuwanvu emikono ataanu, n'o bugazi emikono abiri na itaanu.26Era wabbairewo amadaala musanvu kwe baniiniranga, n'e bizizi byagwo byabbaire mu maiso gaagwo: era gwabbaireku enkindu, olumu eruuyi n'olumu eruuyi ku mifuubeeto gyagwo. 27Era oluya olw'o munda lwabbaire n'o mulyango ogwolekera obukiika obulyo: n'agera okuva ku mulyango okutuuka ku mulyango okwolekera obukiika obulyo emikono kikumi.28Awo n'a ntwala mu luya olw'o munda oluliraine omulyango ogw'obukiika obulyo ng'e bigera ebyo bwe byabbaire; 29n'a mayu gaaku n'e mifuubeeto gyagwo n'e bizizi byagwo ng'e bigera ebyo bwe byabbaire: era gwabbaireku ebituli era n'e bizizi byagwo enjuyi gyonagyona byabbaireku ebituli: obuwanvu bwagwo emikono ataanu n'o bugazi bwagwo emikono abiri na itaano. 30Era wabbairewo ebizizi enjuyi gyonagyona obuwanvu bwabyo emikono abiri na itaanu n'o bugazi bwabyo emikono itaanu. 31N'e bizizi byagwo byayolekeire oluya olw'e wanza; n'e mifuubeeto gyagwo gyabbaire enkindu; n'awaniinirirwa wabbairewo amadaala munaana.32N'a ntwala mu luya olw'o munda okwolekera obuvaisana: n'agera omulyango ng'ebigera ebyo bwe byabbaire; 33n'amayu gaaku n'emifuubeeto gyagwo n'ebizizi byagwo ng'e bigera ebyo bwe byabbaire: era gwabbaireku ebituli, n'e bizizi byagwo enjuyi gyonagoyna byabbaire ku ebituli: obuwanvu bwagwo emikono ataanu n'obugazi bwagwo emikono abiri na itaanu. 34N'e bizizi byagwo byayolekeire oluya olw'ewanza; n'e mifuubeeto gyagwo gyabbaireku enkindu, eruuyi n'e ruuyi: n'a waniinirirwa wabbairewo amadaala munaana.35N'a ntwala ku mulyango ogw'o bukiika obugooda: n'agugera ng'e bigera ebyo bwe byabbaire; 36amayu gaaku n'e mifuubeeto gyagwo n'e bizizi byagwo; era gwabbaireku amadirisa enjuyi gyonagyona: obuwanvu bwagwo emikono ataanu n'o bugazi bwagwo emikono abiri na itaanu. 37N'e mifuubeeto gyagwo gyayolekeire oluya olw'e wanza; era emifubeeto gyagwo gyabbaireku enkindu eruuyi n'e ruuyi: n'awaniinirirwa wabbairewo amadaala munaana.38Era n'e nyumba n'o lwigi lwayo yabbaire eriraine ku mifuubeeto ku miryango; eyo gye banabiryanga ekiweebwayo ekyokyebwa. 39N'o mu kisasi eky'o ku mulyango mwabbairemu emeenza ibiri eruuyi n'e meenza ibiri eruuyi okwitirangaku ekiweebwayo ekyokyebwa n'e kiweebwayo olw'e kibbiibi n'e kiweebwayo olw'o musango.40Era ku luuyi ewanza ng'o niina awayingirirwa mu mulyango okwolekera obukiika obugooda yabbaireyo emeenza ibiri: n'o ku luuyi olw'o kubiri, niilwo lw'e kisasi eky'o ku mulyango, yabbaireyo emeenza ibiri. 41Wabbairewo emeenza ina eruuyi n'e meenza ina eruuyi okuliraana omulyango; emeenza munaana kwe baitiranga sadaaka.42Era wabbairewo emeenza ina egy'e kiweebwayo ekyokyebwa, egy'a mabbaale amateme, obuwanvu bwagyo omukono ekitundu, n'o bugazi bwagyo omukono ekitundu, n'o bugulumivu bwagyo omukono gumu: kwe baateekanga ebintu bye bateekanga ekiweebwayo ebyokyebwa ne sadaaka: 43N'e bikwaso, obuwanvu bwabyo lugalo, byasibiibwe munda enjuyi gyonagyona; n'o ku meenza kwabbaireku enyama ey'e kitone.44Era ewanza w'o luya olw'omunda wabbairewo enyumba egy'a bembi mu luya olw'o munda olwabbaire ku mbali g'o mulyango ogw'obukiika obugooda: era gyalingiriire obukiika obulyo: nga waaliwo imu ku mbali kw'o mulyango ogw'e buvaisana elingirira obukiika obugooda.45Awo n'ankoba nti Enyumba eno eringirira obukiika obulyo ya bakabona abakuumi b’e nyumba gye balagiirwe.46N'e nyumba eringirira obukiika obugooda ya bakabona abakuumi b'ekyoto kye balagiirwe: abo niibo bataane ba Zadoki, niibo b'oku bataane ba Leevi abasemberera Mukama okumuweererya. 47N'agera oluya, obuwanvu bwalwo emikono kikumi n'o bugazi bwalwo emikono kikumi okwekankana; n'e kyoto kyabbaire mu maiso g'e nyumba.48Awo n'antwala ku kisasi eky'e nyumba, n'agera buli mufuubeeto ogw'e kisasi emikono itaanu eruuyi n'e mikono itaanu eruuyi: n'o bugazi obw'omulyango bwabbaire emikono isatu eruuyi n'e mikono isatu eruuyi. 49Obuwanvu bw'e kisasi bwabbaire emikono abiri n'obugazi emikono ikumi na gumu: ng'ogera awali amadaala ge baniinirangaku omwo: era wabbairewo empango egiriraine emifubeeto, imu eruuyi n'e imu eruuyi.
1N'a ntwala ku yeekaalu n'agera emifuubeeto, obugazi bwagyo emikono mukaaga eruuyi n'e mikono mukaaga eruuyi, niibwo bwabbaire obugazi bw'e weema. 2N'awayingirirwa obugazi bwawo emikono ikumi; n'a wayingirirwa empete gyaawo gyabbaire emikono itaanu eruuyi n'e mikono itaanu eruuyi: n'agera obuwanvu bwawo emikono ana n'o bugazi emikono abiri.3Awo n'ayaba munda n'agera buli mufuubeeto oguli awayingirirwa, emikono ebiri: n'a wayingirirwa emikono mukaaga: n'a wayingirirwa obugazi bwawo emikono musanvu. 4N'agera obuwanvu bwawo emikono abiri, n'obugazi bwawo emikono abiri, mu maiso g'e yeekaalu: n'ankoba nti Kino niikyo kifo ekitukuvu einu.5Awo n'agera ekisenge eky'e nyumba emikono mukaaga; na buli nyumba ey'o mu mpete obugazi bwayo emikono ina, okwetooloola enyumba enjuyi gyonagyona. 6N'a mayu ag'o mu mpete gabbaire masatu, enyumba ng'eri waigulu ku nyumba ginaye, era asatu nyiriri nyiriri; era gayingiire mu kisenge eky'e nyumba eyabbaire ey'a mayu ag'o mu mpete enjuyi gyonagyona, gakwaite omwo, so galeke okukwata mu bisenge eby'e nyumba. 7N'a mayu ag'o mu mpete gaabire nga geeyongerya okugaziwa nga gaaba nga geeyongerya waigulu okwetooloola enyumba; kubanga okwetooloola enyumba kwayaba nga kweyongerya waigulu okwebungulula enyumba: obugazi bw'e nyumba kyebwaviire bweyongera waigulu; batyo baniinanga okuva mu nyumba eye wansi okutuuka mu nyumba eya waigulu nga babita mu nyumba eya wakati.8Era ni mbona ng'e nyumba yabbaire ku kigulumu enjuyi gyonagyona: emisingi egy'a mayu ag'o mu mpete gyabbaire olugada lulamba olw'e mikono emiwanvu mukaaga. 9Obugazi bw'e kisenge ekyabbaire eky'a mayu ag'o mu mpete ewanza bwabbaire emikono itaanu: n'eibbanga eryafiikirewo lyabbaire kifo eky'a mayu ag'o mu mpete ag'o mu nyumba.10Era wakati w'a mayu wabbairewo obugazi obw'e mikono abiri okwetooloola enyumba enjuyi gyonagyona: 11N'e njigi egy'o ku mayu ag'o mu mpete gyayolekeire ekifo ekyafiikirewo, olwigi olumu nga lwolekera obukiika obugooda n'o lwigi olundi nga lwolekera obukiika obulyo: n'e kifo ekyafiikirewo obugazi bwakyo bwabbaire emikono itaanu enjuyi gyonagyona.12N'e nyumba eyabbaire mu maiso g'e kifo ekyayawuliibwe ku luuyi olw'e bugwaisana obugazi bwayo bwabbaire emikono nsanvu; n'e kisenge ky'e nyumba obugazi bwakyo bwabbaire emikono itaanu enjuyi gyonagyona, n'o buwanvu bwakyo emikono kyenda. 13Awo atyo n'agera enyumba, obuwanvu bwayo emikono kikumi; n'e kifo ekyayawuliibwe n'e nyumba n'e bisenge byayo, obuwanvu bwakyo emikono kikumi. 14Era obweni bw'e nyumba obugazi bwabwo n'o bw'e kifo ekyayawuliibwe okwolekera ebuvaisana, emikono kikumi.15N'agera enyumba obuwanvu bwayo okuva ku kifo ekyayawuliibwe ekyabbaire emanju waayo n'ebbalaza gyayo eruuyi n'e ruuyi, emikono kikumi; ne yeekaalu ey'o munda n'e bisasi eby'o mu luya; 16emiryango n'a madirisa agaazibibwa n'e bbalaza enjuyi gyonagyona, bbalaza isatu buli bbalaza ng'eri ku bbalaza ginnaaye, okwolekera omulyango, egyabiikiibweku emisaale enjuyi gyonagyona n'o kuva ku itakali okutuuka ku madirisa; era amadirisa gabiikiibweku; 17N'o kutuuka ku ibbanga eryabbaire waigulu w'o lwigi, okutuuka ku nyumba ey'o munda n'e wanza n'o ku kisenge kyonakyona enjuyi gyonagyona munda n'e wanza, okugerebwa kwabyo.18Era yakoleibwe na bakerubi n'e nkindu; n'o lukindu lwateekeibwe wakati wa bakerubi babiri ku babiri, na buli kerubi yabbaire obweni bubiri; 19obweni bw'o muntu ni bwolekera olukindu eruuyi, n'o bweni bw'e mpologoma entonto ne bwolekera olukindu eruuyi: bityo bwe byakoleibwe okubuna enyumba yonayona enjuyi gyonagyona. 20Bakerubi n'e nkindu byakoleibwe okuva ku itakali okutuuka waigulu w'o lwigi ekisenge kye yeekaalu bwe kyabbaire kityo.21Yeekaalu emifuubeeto gyayo gyabbaireku empeta ina n'o bweni bw'a watukuvu enfaanana yaabwo yabbaire ng'e nfaanana eya yeekaalu. 22Ekyoto kyabbaire kye misaale obugulumivu bwakyo emikono isatu n'obuwanvu bwakyo emikono ibiri n'e nsonda gyakyo n'o buwanvu bwakyo n'e bisenge byakyo byabbaire bye misaale: n'ankoba nti eno niiyo meenza eri mu maiso ga Mukama. 23Eri yeekaalu n'a watukuvu byabbaire enjigi ibiri. 24N'enjigi gyabbaire gye mbaawo ibiri, embaawo ibiri egyefunya embaawo ibiri gy'o lwigi lumu, n'e mbaawo ibiri gy'o lwigi olw'o kubiri.25Era kwakoleibweku, ku njigi gy'e yeekaalu, bakerubi n'e nkindu ng'e byakoleibwe ku bisenge; era ku bweni bw'e kisasi ewanza kwabbaireku embaawo egy'e misaale egy'o mubiri omunene. 26Era Wabbairewo amadirisa agaazibibwa n'e nkindu eruuyi n'e ruuyi ku njuyi gy'e kisasi: amayu ag'o mu mpete ag'o mu nyumba bwe gabbaire gatyo n'e mbaawo egy'o mubiri omunene.
1Awo n'a nfulumya mu luya olw'e wanza, niiyo engira eira obukiika obugooda: n'a nyingirya mu nyumba eyayolekeire ekifo ekyayawuliibwe era eyayolekeire enyumba ku luuyi olw'o kuniinirirwaku obugooda. 2Mu maiso g'o buwanvu buli obw'e mikono ekikumi niiwo wabbaire olwigi olw'o bukiika obugooda, n'o bugazi bwabbaire emikono ataanu. 3Okwolekera emikono abiri gidi egy'oluya olw'omunda n'okwolekera amabbaale Ezekyeri4No mu maiso g'a mayu wabbaire waaliwo engira obugazi bwayo emikono ikumi munda, engira y'o mukono gumu; n'e njigi gyago gyayolekeire obukiika obugooda. 5Era amayu ga waigulu gabbaire mampi okusinga ago: kubanga ebbalaza gyasalire ku ago okusinga bwe gyasalire ku gye wansi n'e gya wakati mu nyumba. 6Kubanga gabbaire amayu aga waigulu masatu, so tegabbaire mpango ng'e mpango egy'o mu mpya: eya waigulu Kyeyaviire efunzibwa okusinga eya wansi n'e ya wakati okuva ku itakali.7N'e kisenge ekyabbaire ewanza ekyaliraine amayu okwolekera oluya olw'e wanza mu maiso g'a mayu obuwanvu bwakyo bwabbaire emikono ataanu. 8Kubanga obuwanvu bw'a mayu agabbaire mu luya lw'e wanza bwabbaire emikono ataanu: era, bona, mu maiso g'e yeekaalu wabbairewo emikono kikumi. 9Era wansi w'a mayu ago we baavanga okuyingira ku luuyi olw'e buvaisana, ng'o yingira mu igo ng'o mu luya olw'e wanza.10Ku mubiri gw'e kisenge eky'o luya kwolekeire obuvaisana, mu maiso g’e kifo ekyayawuliibwe n"o mu maiso n'e nyumba, kwabbaireku amayu. 11N'e ngira eyabbaire mu maiso gaago yabbaire ng'e nfaanana ey'e ngira ey'a mayu agayolekeire obukiika obugooda; ng'o buwanvu bwago, n'o bugazi bwago bwe bwabbaire butyo: n'a wafulumirwa mu igo wonawona wabbaire ng'e ngeri gyago bwe gyabbaire era ng'e njigi gyago bwe gyabbaire. 12Era ng'e njigi egy'a mayu agayolekeire obukiika obulyo bwe gyabbaire, olwigi bwe lwabbaire lutyo engira we sibuka eri dala mu bweni bw'e kisenge ebuvaisana bw'oyingira mu igo.13Awo n'a nkoba nti Amayu ag'o bukiika obugooda n'a mayu ag'o bukiika obulyo goolekeire ekifo ekyayawuliibwe ago niigo mayu amatukuvu, bakabona abali okumpi n'o Mukama mwe baliiranga ebintu ebitukuvu einu: eyo gye bateekanga ebintu ebitukuvu einu n'e kiweebwayo eky'o bwita n'e kiweebwayo olw'e bibiibi n'e kiweebwayo olw'o musango; kubanga ekifo ekyo kitukuvu. 14Bakabona bwe bayingirangamu, kale tibavanga mu kifo ekitukuvu okuyingira mu luya olw'e wanza, naye bateekanga eyo ebivaalo byabwe bye baweerereryamu; kubanga bitukuvu; kale yavaalanga ebivaalo ebindi, kaisi ni basemberera ekyo eky'a bantu.15Awo bwe yamalire okugera enyumba ey'o munda, n'anfulumira mu ngirira ery'o mulyango ogulingirira obuvaisana, n'agigera enjuyi gyonagoyna.16N'agera ku luuyi olw'ebuvaisana n'o lugada olwo olugera, engada bitaanu, n'o lugada olugera enjuyi gyonagyona. 17N'agera ku luuyi olw'obukiika obugooda n'o lugada olugera, engada bitaanu enjuyi gyonagyona. 18N'agera ku luuyi olw'o bukiika obulyo, engada bitaanu, n'o lugada olugera. 19N'akyukira eri oluuyi olw'ebugwaisana n'agera engada bitaanu, n'o lugada olugera.20Yagigerere enjuyi ina: yabbaire bugwe enjuyi gyonagyona, obuwanvu bitaanu n'o bugazi bitaanu, okwawula ebitukuvu n'e bitali bitukuvu. gabbaire ag'o mu luya olw'e wanza niiwo wabbaire ebbalaza ng'e yolekera ebbalaza ginaaye mu nyumba eya waigulu ey'o kusatu.
1Awo oluvannyuma n'a ntwala eri omulyango, omulyango ogwo ogulingirira obuvaisana: 2kale, bona, ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri nga kiiza nga kiva mu ngira ey'e buvaisana: n'e idoboozi lye lyabbaire ng'o kuwuuma kw'a maizi amangi: ensi n'e masamasa olw'e kitiibwa kye.3Era kyabbaire ng'embala ey'o kwolesebwa kwe nabona, ng'o kwolesebwa kwe n'abona bwe naiza okuzikirirya ekibuga: era okwolesebwa kwabbaire ng'o kwolesebwa kwe naboine ku lubalama lw'o mwiga Kebali: awo ne nvuunama amaiso gange. 4Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu nyumba nga kifuluma mu ngira ery'o mulyango ogulingirira ebuvaisana. 5Omwoyo ni gunsitula ne gundeeta mu luya olw'o munda; kale, bona, ekitiibwa kya Mukama ne kiizula enyumba.6Awo ne mpulira atumula nanze ng'ayema mu nyumba; omusaiza n'ayemerera ku mbali kwange. 7Awo n'a nkoba nti Mwana w'o muntu, kino niikyo kifo eky'e ntebe yange, n'e kifo ebigere byange we biniina, we nabbanga wakati mu baana ba Isiraeri emirembe gyonagyona: so n'e nyumba ya Isiraeri terigwagwawalya ate eriina lyange eitukuvu, bo waire kabaka waabwe, olw'o bwenzi bwabwe n'o lw'emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu; 8nga bateeka omulyango gwabwe ku mbbali kw'o mulyango gwange, n'o mufuubeeto gwabwe ku mbali kw'o mufuubeeto gwange, ekisenge ekyereere n'ikyawula nze nabo; era bagwagwawairye eriina lyange eitukuvu n'e mizizo gyabwe gye bakola: kyenaviire mbamalawo n'o busungu bwange.9Atyanu batoolewo obwenzi bwabwe n'e mirambo gya bakabaka baabwe okubba ewala nanze, nzena nabbanga wakati mu ibo emirembe gyonagyona.10Iwe omwana w'o muntu, laga enyumba ya Isiraeri enyumba, bakwatiirwe ensoni obutali butuukirivu bwabwe: era bagere ekyokuboneraku. 11Awo bwe bakwatirwa ensoni ebyo byonabyona bye bakolere, bategeeze enyumba bw'e faanana n'e ngeri yaayo n'a wafulumirwa n'a wayingirirwa n'e mbala gyayo gyonagyona n'e biragiro byayo byonabyona n'e mbala gyayo gyonagyona n'a mateeka gaayo gonagona, ogiwandiike ibo nga babona: Kaisi bagikwate yonayona: nga bw'e faanana n'e biragiro byayo byonabyona, babikolenga.12Lino niilyo iteeka ery'e nyumba: ku ntiiko y'o lusozi embbiibi yaayo yonayona enjuyi gyonagyona eribba ntukuvu inu. Bona, eryo niilyo eiteeka ery'e nyumba.13Era kuno niikwo kugerebwa kw'e kyoto ng'e mikono bwe gyekankana: (omukono gwe mukono ko oluta:) entobo eribba y'o mukono gumu, n'o bugazi mukono gumu, n'o mwigo gwakyo ku munwa gwakyo okwetooloola gulibba gwo luta: era eyo niiyo yabba entobo y'e kyoto. 14N'o kuva ku ntobo wansi okutuuka ku mwigo ogwe wansi walibba emikono ibiri n'o bugazi omukono gumu; n'o kuva ku mwigo omutono okutuuka ku mwigo omunene walibba emikono ina n'o bugazi omukono gumu.15N'e kyoto ekya waigulu kiribba kye mikono ina: n'o kuva ku kyoto wansi n'o kwambukayo walibba amaziga ana. 16N'e kyoto wansi kiribba emikono ikumi n'a ibiri obuwanvu n'e ikumi n'e ibiri obugazi, enjuyi gyakyo ina nga gyekankana. 17N'omwigo gulibba emikono ikumi n'a ina obuwanvu n'e ikumi n'e ina obugazi, mu njuyi gyagwo ina; n'o mwigo ogugwetooloola gulibba kitundu kye mukono; n'e ntobo yaagwo eribba omukono gumu enjuyi gyonagyona; n'a madaala gaagwo galiringira ebuvaisana.18N'a nkoba nti mwana w'o muntu, Ati bw'atumula Mukama Katonda nti bino niibyo biragiro eby'e kyoto ku lunaku lwe balikikola, okuweerangayo, okwo ebiweebwayo ebyokyebwa n'o kumansirangaku omusaayi. 19Bakabona, Abaleevi ab'o ku izaire lya Zadoki abandi okumpi, olibawa ente okubba ekiweebwayo olw'e kibbiibi, okumpeererya, bw'atumula Mukama Katonda.20Era olitoola ku musaayi gwayo n'o guteeka ku maziga gaakyo ana n'o ku nsonda ina egy'o mwigo n'o ku mwigo ogwetooloola; otyo bwe kirongoosyanga n'okitangirira. 21Era otwalanga ente ey'e kiweebwayo olw'e kibbiibi, n'agyokyerya mu kifo eky'enyumba ekyalagiirwe ewanza w'a watukuvu.22Awo ku lunaku olw'o kubiri n'o wangayo embuli enume ebulaku buleme okubba ekiweebwayo olw'e kibbiibi; ni balongoosya ekyoto nga bwe bakirongoosya n'e nte. 23Bw'olimala okukirongoosya, owangayo ente envubuka ebulaku buleme n'e ntama enume ebulaku buleme etooleibwe mu kisibo. 24N'obisemberya mu maiso ga Mukama, bakabona ne babisuulaku omunyu ne babiwaayo okubba ekiweebwayo ekyokyebwa eri Mukama.25Mu naku omusanvu wategekerangamu buli lunaku embuli okubba ekiweebwayo olw'e kibbiibi era bategekenga ente envubuka n'e ntama enume ebulaku buleme etooleibwe mu kisibo. 26Enaku musanvu batangirirenga ekyoto bakirongoosye; batyo bwe babba bakyawula: 27Awo bwe balimala enaku egyo, olulituuka ku lunaku olw'o munaana n'o kweyongerayo, bakabona baweerengayo ku kyoto ebiweebwayo byanyu ebyokyebwa n'e biweebwayo byanyu olw'emirembe; nzena ndibaikirirya, bw'atumula Mukama Katonda.
1Awo n'angiryayo mu ngira ery'o mulyango ogw'ewanza ogw'a watukuvu ogulingirira obuvaisana; awo nga lwigale. 2Awo Mukama n'a nkoba nti omulyango guno guliigalwawo, tiguliigulwawo so tiwalibba muntu aliyingirira mu igwo, kubanga Mukama Katonda wa Isiraeri ayingiriire omwo; kye gwavanga gwigalwawo. 3Omulangira niiye alityama omwo nga iye mulangira okuliiranga emere mu maiso ga Mukama; aliyingira ng’a fuluma mu ngira ey'e kisasi eky’o mulyango, n'o mu ngira omwo mwe yabitanga ng'a vaamu.4Awo n'a ntwala mu ngira ey'o mulyango ogw'obukiika obugooda mu maiso g'e nyumba; ni ninga, kale, bona, ekitiibwa kya Mukama nga kizwiire enyumba ya Mukama; ne nvuunama amaiso gange; 5Awo Mukama n'a nkoba nti mwana w'o muntu, weetegereze inu, omoge n'a maiso go era owulire n'a matu go ebyo byonabyona bye nkukoba ku biragiro byonabyona eby'omu nyumba ya Mukama n'a mateeka gaayo gonagona; era weetegereze inu awayingirirwa mu nyumba na buli awafulumirwa mu watukuvu.6Era okobanga abajeemu, okobanga enyumba ya Isiraeri nti Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Ai imwe enyumba ya Isiraeri, emizizo gyanyu gyonagyona gibamale, 7kubanga mwegeresya banaigwanga abatali bakomole mu mwoyo era abatali bakomole mu mubiri, okubbeerera mu watukuvu wange, okwonoonawo, enyumba yange, bwe muwaayo emere yange, amasavu n'o musaayi, era ibo bamenye endagaanu yange, okwongera ku mizizyo gyanyu gyonagyona.8So timukuumire bintu byange ebitukuvu bye mwalagiirwe: naye mweteekeirewo mwenka abakuumi b'e byo bye nalagiire mu watukuvu wange. 9Ati bw'atumula Mukama Katonda nti tewalibba munaigwanga, atali mukomole mu mwoyo era atali mukomole mu mubiri, aliyingira mu watukuvu wange, munaigwanga yenayena yabbanga mu baana ba Isiraeri.10Naye Abaleevi abesambira dala, Isiraeri bwe yawabire, abaawabire okunvaaku okusengererya ebifaananyi byabwe; abo balibbaaku obutali butuukirivu bwabwe. 11Era naye balibba baweererya mu watukuvu wange, nga balina okulabirira ku miryango gy'e nyumba, era nga baweerererya mu nyumba; abo be baitiranga abantu ekiweebwayo ekyokyebwa n'e sadaaka, eta bayemereranga mu maiso gaabwe okubaweererya. 12Kubanga babaweerereryanga mu maiso g'e bifaananyi byabwe ne bafuuka nkonge ey'o butali butuukirivu eri enyumba ya Isiraeri; kyenviire mbayimusiryaku omukono gwange, bw'atumula Mukama Katonda, era balibbaaku obutali butuukirivu bwabwe.13So tebalinsemberera okukola omulimu ogw'o bwakabona gye ndi, waire okusemberera ekintu kyonakyona ku bintu byange ebitukuvu, eri ebintu ebisinga obutukuvu: naye balibbaaku ensoni gyabwe n'e mizizyo gyabwe gye bakolanga. 14Era naye ndibafuula abakuumi b'e nyumba gye baliragirwa, olw'okuweererya kwamu kwonakwona n'o lwa byonabyona ebirikolebwa omwo.15Naye bakabona, Abaleevi, bataane ba Zadoki, abaakuumanga awatukuvu wange nga bwe baalagiirwe, abaana ba Isiraeri bwe bawabire okunvaaku, abo niibo balinsemberera okumpeererya; era bemereranga mu maiso gange, okuwangayo gye ndi amasavu n'o musaayi, bw'atumula Mukama Katonda: 16abo bayingiranga mu watukuvu wange, era basembereranga emeenza yange okumpeererya, era bakuumanga ebyo bye ndibalagira.1717 Awo olwatuukanga bwe bayingiranga mu miryango egy'o luya olw'o munda, bavaalanga ebivaalo ebya bafuta; so tewaabbenga byoya bye bavaalanga bwe babbanga nga baweerererya mu miryango egy'o luya olw'o munda no munda. 18Babbanga n'ebiremba ebya bafuta ku mitwe gyabwe, era bavaalanga seruwale egya bafuta mu nkeende gyabwe; tibeesibenga kintu kyonakyona ekituuyanya.19Awo bwe bafulumanga mu luya olw'e wamza, mu luya olw'e wanza eri abantu, bayambulanga ebivaalo byabwe bye baweerereryamu, ni babigisa mu nyumba entukuvu, ni bavaala ebivaalo ebindi, balekenga okutukulya abantu n'e bivaalo byabwe.20So tebamwanga mitwe gyabwe, so tebakulyanga mivumbo gyabwe; basalanga busali enziiri egy'oku mitwe gyabwe. 21So n'o kabona yenayena tanywanga mwenge nga bayingira mu luya lw'o munda. 22So tebakwanga namwandu waire eyabbingiibwe ibaye: naye bakwenga abawala abatamaite musaiza ab'oku izaire ery'e nyumba ya Isiraeri, namwandu eyabbaire muka kabona.23Era bayigiriranga abantu bange enjawulo bw'eri ey'ekitukuvu n'ekitali kitukuvu, ne babaawulya ekitali kirongoofu n'e kirongoofu. 24N'a wali empaka niibo bayemereranga okusala omusango; ng'emisango gyange bwe giri bwe bagisalanga: era bakwatenga amateeka gange n'e biragiro byange mu mbaga gyange gyonagoyna egyalagiirwe; era batukulyenga sabbiiti gyange.25So tebasembereranga mufu yenayena okwegwagwawalya: naye olwa itawabwe ba mawabwe oba mutaane waabwe oba muwala waabwe, olwo mugande waabwe oba mwanyoko wabwe atabbanga n'o ibaye, basobola okweyonoona. 26Awo bw'a malanga okulongoosebwa, bamubalirenga enaku musanvu. 27Awo ku lunaku lw'e yayingiranga mu watukuvu, mu luya olw'o munda, okuweerererya mu watukuvu, yawangayo ekikye ekiweebwayo olw'e kibbiibi, bw'atumula Mukama Katonda.28Era balibba n’o busika; nze ndi busika bwabwe: so temubawanga butaka mu Isiraeri; ninze butaka bwabwe. 29Baalyanga ekiweebwayo eky'o bwita n'e kiweebwayo olw'e kibbiibi n'e kiweewayo olw'o musango; era buli kintu ekiwongebwa mu Isiraeri kyabbanga kyabwe.30N'ebisooka ku bibala byonabyona ebiberyeberye ku byonabyona na buli kitone ekya buli kintu ku bitone naimwe byonabyona byabbanga bya bakabona: era mwawanga kabona obwita bwanyu obudyokolebwa obusooka, okutyamisya omukisa ku nyumba yo. 31Bakabona tibalyanga ku kintu kyonakyona ekifa kyonka waire eyataagwirwe oba nyonyi oba nsolo.
1Era ate bwe muligabana n'obululu ensi okubba obusika, muwangayo ekitone eri Mukama, omugabo gw'e nsi omutukuvu: obuwanvu bwagwo bulibba buwanvu obw'e ngada emitwaalo ibiri mu nkumi itanu, n'o bugazi omutwalo: gulibba mutukuvu mu nsalo yaagwo yonayona okwetooloola. 2Ku igwo kulitoolebwaku olw'e kifo ekitukuvu bitaanu obuwanvu bitaanu obugazi okwekankana enjuyi gyonagyona: n'e mikono ataanu olw'e mbuga yaaku enjuyi gyonagyona.3Era oligerya ekigera kino, obuwanvu obw'emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu n'o bugazi obw'o mutwaalo gumu: n'o mwo niimwo mulibba awatukuvu, awatukuvu einu. 4Ogwo niigwo mugabo gw'e nsi omutukuvu; gulibba gwa bakabona, abaweererya ab'o mu watukuvu, abasembera okuweererya Mukama; era kiribba kifo kye nyumba gyabwe, era ekifo ekitukuvu eky'a watukuvu. 5Kale Abaleevi, abaweererya ab'o mu nyumba, balibba n'e mitwaalo ibiri mu kumi itaanu obuwanvu n'o mutwalo obugazi, okubba obutaka bwabwe, ku bwabwe, olw'a mayu abiri.6Era muteekangawo obutaka obw'e kibuga, enkumi itaanu obugazi n'o bukumi bubiri mu enkumi itaanu obuwanvu, okuliraana ekitone eky'o mugabo omutukuvu: bulibba bwe nyumba yonayona eya Isiraeri. 7Era buli ekiribba eky'o mulangira kiribba ku mbali g'o mugabo omutukuvu n'o butaka obw'e kibuga eruuyi n'e ruuyi, mu maiso g'e kitone ekitukuvu n'o mu maiso g'obutaka obw'ekibuga, ku luuyi olw'e bugwaisana ebugwaisana, n'o ku luuyi olw'e buvaisana ebuvaisaa: n'o buwanvu nga kyekankana n'o mugabo ogumu ku migabo okuva ku nsalo ey'e bugwaisana okutuuka ku nsalo ey'e buvaisana.8Bulibba butaka gy'ali mu nsi mu Isiraeri: so n'abalangira tebalijooga ate abantu bange; naye baliwa enyumba ya Isiraeri ensi ng'e bika byabwe bwe biri.9Ati bw'atumula Mukama Katonda nti jibamale, ai abalangira ba Isiraeri: mutoolewo ekyeju n'o kunyaga, mutuukirirye omusango n'e by'e nsonga; abantu bange mu batooleku obukamuli bwanyu, bw'a tumula Mukama Katonda. 10Mubbanga ne minzaani ey'a mazima ne efa ey'a mazima n'e nsuwa ey'a mazima. 11Efa n'e nsuwa bibbenga bye kigera kimu, ensuwa etoolemu ekitundu eky'eikumi eky'e komeri: ekigera kyayo kibba ng'e komeri bw'eri. 12N'e sekeri eri bigera abiri: sekeri abiri n'e sekeri abiri na itaanu ne sekeri ikumi na itaanu, maanu yanyu bw'eribba etyo.13Kino niikyo kitone kye mwangayo; ekitundu eky'o mukaaga ekye efa ekitoolebwa ku komero ey'e ŋaanu, era mwawanga ekitundu eky'o mukaaga ekye efa ku buli komeri eya sayiri: 14N'o mugabo ogw'a mafuta ogulagirwa, ogw'o ku nsuwa ey'a mafuta, gwabbanga kitundu kye ikumi eky'ensuwa, ekitoolebwa ku kooli; niigyo nsuwa ikumi, niiyo komeri; kubanga ensuwa ikumi niiyo komeri: 15n'o mwana gw'e ntama ogumu ogw'o mu kisibo, ogutoolebwa ku bibiri, ku malisiryo amagimu aga Isiraeri; olw'ekiweebwayo eky'obwita n'e kiweebwayo ekyokyebwa n'e biweebwayo olw'e mirembe, okubatangiriranga, bw'a tumula Mukama Katonda.16Abantu bonabona ab'o mu nsi bawanga olw'e kitone ekyo olw'omulangira mu Isiraeri. 17Era omulangira niiye yawanga ebiweebwayo ebyokyebwa n'e biweebwayo eby'o bwita n'e biweebwayo ebyokunywa ku mbaga n'o ku myezi egyakaboneka n'o ku sabbiiti, ku mbaga gyonagyona egyalagiirwe egy'enyumba ya Isiraeri: iye n'ategekanga ekiweebwayo olw'e kibbiibi n'e kiweebwayo eky'obwita n'e kiweebwayo ekyokyebwa n'e biweebwayo olw'emirembe, okutangiriranga enyumba ya Isiraeri.18Ati bw'a tumula Mukama Katonda nti Mu mwezi ogw'oluberyeberye ku lunaku olw'omwezi olw'o luberyeberye oiriranga ente envubuka ebulaku buleme; n'o longoosya awatukuvu. 19N'o kabona atoolenga ku musaayi ogw'e kiweebwayo olw'e kibbiibi n'aguteeka ku mifuubeeto gy'e nyumba n'o ku nsonda eina egy'omwigo ogw'e kyoto n'o ku mifuubeeto egy'oku mulyango ogw'oluya olw'o munda. 20Era okolanga otyo ku lunaku olw'o mwezi olw'o musanvu olwa buli muntu asobya n'oyo abula magezi: mutyo bwe mwatangiriranga enyumba.21Mu mwezi ogw'o luberyeberye ku lunaku olw'o mwezi olw'e ikumi n'e ina mubbenga n'o kubitaku, embaga ey'e naku omusanvu; emigaati egitazimbulukuswa niigyo gyaliibwanga. 22Awo ku lunaku olwo omulangira yeetegekerenga mwene n'a bantu bonabona ab'o mu nsi ente okubba ekiweebwayo olw'ekibbiibi.23N'o mu naku omusanvu egy'e mbaga ategekenga ekiweebwayo ekyokyebwa eri Mukama, ente musanvu n'e ntama enume musanvu egibulaku buleme, buli lunaku okumalaku enaku omusanvu; n'e mbuli enume buli lunaku okubba ekiweebwayo olw'ekibbiibi. 24Era ategekenga ekiweebwayo eky'obwita, efa y'e nte, ne efa y'e ntama enume, na buli efa yini ey'a mafuta.25Mu mwezi ogw'o musanvu ku lunaku olw'o mwezi olw'e ikumi n'e itaanu mu mbaga akolenga atyo okumala enaku omusanvu; ng'e kiweebwayo olw'ekibbiibi bwe kiri, n'e kiweebwayo ekyokyebwa, n'e kiweebwayo eky'obwita, n'a mafuta nga bwe gali.
1Ati bw'atumula Mukama Katonda nti omulyango ogw'o luya olw'o munda ogulingirira ebuvaisana bagwigalirangawo enaku omukaaga egikolerwamu omulimu; naye ku lunaku olwa sabbiiti bagwigulangawo, n'e ku lunaku olw'o mwezi ogwakaboneka bagwigulangawo. 2Era omulangira yayingiranga ng'a fuluma mu ngira ey'e kisasi eky'o mulyango ogw'ewanza, n'a yemerera awali omufuubeeto ogw'o mulyango, na bakabona bategekenga ekikye ekiweebwayo ekyokyebwa n'e bibye ebiweebwayo olw'e mirembe, n'asinzizya awayingirirwa ow'o mulyango; kale n'a fuluma: naye omulyango tibagwigalangawo okutuusya olweigulo.3N'a bantu ab'o mu nsi basinzizyenga ku lwigi olw'omulyango ogwo mu maiso ga Mukama ku sabbiiti n'o ku myezi egyakaboneka. 4N'e kiweebwayo ekyokyebwa omulangira ky'eyawangayo eri Mukama kyabbanga ku lunaku olwa sabbiiti abaana b'e ntama mukaaga ababulaku buleme n'e ntama enume ebulaku buleme; 5n'e kiweebwayo eky'obwita kyabbanga efa ku ntama enume, n'e kiweebwayo eky'o bwita ku baana b'e ntama nga bw'eyasobolanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta.6N'o ku lunaku olw'o mwezi ogwakaboneka kyabbanga ente envubuka ebulaku buleme; n'a baana b'e ntama mukaaga n'e ntama enume; gyabbanga egibulaku buleme: 7era ategekenga ekiweebwayo eky'obwita, efa ku nte, ne efa ku ntama enume, n'o ku baana b'e ntama nga bw'e yasobolanga, na buli efa yini ya mafuta. 8Era omulangira bw'e yayingiranga, yayingiranga ng'afuluma mu ngira ey'ekisasi eky'o mulyango, era yavangamu ng'afuluma mu ngira omwo.9Naye abantu ab'o mu nsi bwe baizanga mu maiso ga Mukama mu mbaga egyalagiirwe, oyo yayingiranga ng'afuluma mu ngira ey'omulyango ogw'o bukiika obugooda okusinza yavangamu ng'afuluma mu ngira ey'o mulyango ogw'o bukiika obulyo; n'oyo eyayingiranga ng'afuluma mu ngira ey'o mulyango ogw'obukiika obulyo yavangamu ng'afuluma mu ngira ey'o mulyango ogw'o bukiika obugooda: tairirangayo mu ngira ey'o mulyango mwe yayingiriire, naye avengamu nga yeesimbire mu maiso ge. 10N'omulangira, bwe bweyayingirangamu, yayabiranga wakati mu ibo; era bwe bavangamu, baviirangamu wamu.11N'o mu mbaga n'o ku naku enkulu ekiweebwayo eky'o bwita kyabbanga efa ku nte n'o efa ku ntama enume n'o ku b'e ntama nga bw'e yasobolanga okuwa, na buli efa yini ya mafuta. 12Era omulangira bw'e yategekanga ekyo kye yawangayo ku bubwe, ekiweebwayo ekyokyebwa oba ebiweebwayo olw'e mirembe okubba ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama, bamwigulirangawo omulyango ogulingirira obuvaisana, era yategekanga ekikye ekiweebwayo ekyokyebwa n'e bibye by'a waayo ku bubwe nga bw'a kola ku lunaku olwa sabbiiti: kale afulumenga; awo ng'a malire okufuluma, baigalangawo omulyango.13Era otegekanga omwana gw'e ntama ogwakamala omwaka gumu ogubulaku buleme okubba ekiweebwayo ekyo kyebwa eri Mukama buli lunaku: buli makeeri ogutegekanga. 14Era otegekanga wamu nagwo ekiweebwayo eky’o bwita buli makeeri, ekitundu eky’e ikumi ekya efa n’e kitundu eky’okusatu ekya yini ey’a mafuta, okunikirya obwita obusa; ekiweebwayo eky'o bwita eri Mukama eky'o lutalekula olw'e kiragiro ekitaliwaawo. 15Batyo bwe babba bategekanga omwana gw'e ntama n'e kiweebwayo eky'o bwita n'amafuta; buli makeeri okubba ekiweebwayo ekyokyebwa eky'o lutalekula.16Ati bw'atumula Mukama Katonda nti Omulangira bw'e yawanga ekirabo Mutaane we yenayena, nga niibwo busika bwe, bulibba bwa bataane be; butaka bwabwe olw'obusika. 17Naye bw'e yawanga ku busika bwe omwidu we yenayena ekirabo, kiribba kikye okutuuka ku mwaka ogw'e idembe; Kaisi ni kiira eri omulangira; naye obusika bwe, obwo bulibba bwa bataane be. 18Era ate omulangira tatwalanga ku busika obw'a bantu okubabbinga mu butaka bwabwe; yawanga bataane be obusika ng'a buyaka ku butaka bwe iye: abantu bange, balekenga okusaansaana buli muntu okuva ku butaka bwe.19Awo n'a mbitya awayingirirwa ku mbali kw'o mulyango n'a nyingirya mu nyumba entukuvu egya bakabona egyalingiiriire obukiika obugooda era, bona, waaliwo ekifo ku luuyi olw'enyuma ebugwaisana. 20N'ankoba nti kino niikyo kifo bakabona we bafumbiranga ekiweebwayo olw'o musango n'e kiweebwayo olw'e kibbiibi, we bayokyeranga ekiweebwayo eky'o bwita; baleke okubifulumya mu luya olw'e wanza okutukulya abantu.21Awo n'a nfulumya mu luya olw'e wanza, n'a mbitya ku nsonda ina egy'o luya era, bona, mu buli nsonda ey'o luya nga mulimu oluya. 22Mu nsonda eina egy'o luya mwabbairemu empya egyakomeirwe, obuwanvu bwagyo emikono ana n'o bugazi asatu: egyo eina egyabbaire mu nsonda gyabbaire gye kigera kimu. 23Era wabbairewo olubu oluzimbibwa olwetooloire mu igyo okugyetooloola egyo eina, era lwakoleibwe nga lulimu ebifo eby'o kuufumbiramu wansi w'e mbu enjuyi gyonagyona. 24Awo n'ankoba nti gino niigyo enyumba ez egy'okufumbirangamu, abaweereza ab'e nyumba we bafumbiranga sadaaka ey'a bantu.
1Awo n'a ngiryayo ku lwigi olw'e nyumba; kale, bona, amaizi gaasibuka nga gava wansi w'o mulyango ogw'e nyumba ebuvaisana, kubanga obweni bw'e nyumba bwayolekeire obuvaisana: amaizi ne gaserengeta nga gava wansi ku luuyi olw'e nyumba olulyo ku luuyi olw'e kyoto olw'o bukiika obulyo. 2Awo n'a nfulumirya mu ngira ey'o mulyango obukiika obugooda, n'a ntwala n'aneetooloolya mu ngira eye wanza okutuuka ku mulyango ogw'e wanza mu ngira ey'o mulyango ogulingirira ebuvaisana; era, bona, amaizi nga gakulukutira ku luuyi olulyo.3Omusaiza bwe yaviiremu ng'a njaba ebuvaisana ng'a kwaite omuguwa mu mukono gwe, n'agera emikono lukumi, n'a mbitya mu maizi, amaizi agakoma mu bukongovvule. 4Ate n'agera lukumi, n'a mbitya mu maizi, amaizi agakoma mu makumbo. Ate n'agera lukumi, n'a mbitya mu maizi, amaizi agakoma mu nkende. 5Oluvanyuma n'agera lukumi; ne gubba mwiga gwe ntasoboire kusomoka: kubanga amaizi gabbaire gatumbwire, amaizi ag'o kuwugirira, omwiga ogutasoboka kusomokeka.6N'ankoba nti mwana w'o mumu, oboine? Awo n'antwala n'angiryayo ku lubalama lw'o mwiga. 7Awo bwe nabbaire nga ngirireyo, bona, ku lubalama lw'o mwiga nga kuliku emisaale mingi inu eruuyi n'eruuyi. 8Awo n'a nkoba nti amaizi gano gasibuka okwabaa mu njuyi egy'e buvaisana, era galiserengeta mu Alaba: era galyaba eri enyanza; mu nyanza amaizi gye galiira agaasibusiibwe; era amaizi galiwonyezebwa:9Awo olulituuka buli kintu ekiramu kye gaizula mu buli kifo emiiga gye girituuka kiriibba kiramu; era walibbaawo olufulube lw'e bye nyanza lungi inu: kubanga amaizi gano gatuukire eyo, n'amaizi ag'omu nyanza galiwonyezebwa, na buli kintu kiribba kiramu buli omwiga gye gwatuukanga. 10Awo olulituuka abavubi balyemerera ku mbali gaagwo: okuva Engedi okutuuka e Negulayimu walibba ekifo eky'okusuuliramu ebitiimba; eby'e nyanza byabwe biribba ng'engeri gyabyo bwe biribba, okwekankana eby'e nyanza ebiri mu nyanza enene, bingi inu dala.11Naye ebifo eby'eitosi n'emiiga gyagwo tebiriwonyezebwa; biriweebwayo eri omunyu. 12Era ku miiga ku lubalama lwagwo eruuyi n'eruuyi kulimera buli musaale ogubbaaku emere ogutaliwotoka malagala gaagwo, so n'e bibala byagwo tibiriwaawo: gulibala ebibala biyaka buli mwezi kubanga amaizi gaagwo gava mu watukuvu: n'ebibala byagwo biribba mere, n'amalagala gaagwo galibba go bulezi kuwonya.13Ati bw'atumula Mukama Katonda nti eno niiye eribba ensalo gye muligabaniraku ensi okubba obusika ng'ebika eikumi n'ebibiri ebya Isiraeri bwe biri: Yusufu alibba n'emigabo. 14Mwena muligisika buli muntu nga mwinaye: gye nayimusiirye omukono gwange okugiwa bazeiza banyu: era ensi eno eribagwira okubba obusika.15Era eno niiyo eribba ensalo y'e nsi: ku luuyi olw'o bukiika obugooda okuva ku mbali kw'engira ey'e Kesulooni okutuuka awayingirirwa e Zedadi; 16Kamasi, Berosa, Sibulayimu ekiri wakati w'e nsalo y'e Damasiko n'ensalo y'e Kamasi; Kazerukatikoni ekiri ku nsalo y'e Kawulaani. 17N'e nsalo eva ku nyanza eribba Kazalenooni awali ensalo y'e Damasiko, n'o ku luuyi olw'o bukiika obugooda obukiika obwa obulyo niiyo eri ensalo y'e Kamasi. Olwo niilwo luuyi olw'obukiika obugooda.18N'o luuyi olw'ebuvaisana wakati w’e Kawulaani ne Damasiko ne Gireyaadi n'e nsi ya Isiraeri lulibba Yoludaani; muligera okuva ku nsalo ey'o bukiika obugooda okutuuka ku nyanza ey'e buvaisana. Olwo niilwo luuyi olw'ebuvaisana. 19N'oluuyi olw'o bukiika obulyo eri obukiika obulyo luliva ku Tamali okutuuka ku maizi ag'e Meribosukadesi okutuuka ku kaiga ak'e Misiri okutuuka ku nyanza enene. Olwo niilwo luuyi olw'obukiika obulyo mu busimba bwabwo. 20N'oluuyi olw'e bugwaisana lulibba nyanza nene okuva ku nsalo ey'obukiika obulyo okutuuka awayolekera awayingirirwa mu Kamasi. Olwo niirwo luuyi olw'ebugwaisana.21Mutyo bwe muligabana ensi eno mwenka na mwenka, ng'ebika bya Isiraeri bwe biri. 22Awo olulituuka muligigabana n'obululu okubba obusika gye muli n'eri banaigwanga ababba mu imwe abalizaala abaana mu imwe; kale balibba gye muli ng'enzaalwa mu baana ba Isiraeri; balibba n'obusika wamu naimwe mu bika bya Isiraeri. 23Awo olulituuka mu buli kika munaigwanga mweyabbanga eyo gye mulimuwa obusika bwe, bw'atumula Mukama Katonda.
1Era gano niigo maina g'ebika okuva ku nkomerero ey'obukiika obugooda, ku mbali kw'e ngira Agekesulooni okutuuka awayingirirwa mu Kamasi, Kazalemaani awali ensalo y'e Damasiko, ku luuyi olw'o bukiika obugooda ku mbali kw'e Kamasi; era balibba n'empete gyabwe nga giringirira ebuvaisana n'ebugwaisana; Daani omugabo gumu. 2N'awali ensalo ya Daani, okuva ku lumpete olw'e buvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Aseri omugabo gumu. 3N'awali ensalo ya Aseri, okuva ku lumpete olw'e buvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Nafutaali omugabo gumu.4N'awali ensalo ya Nafutaali, okuva ku lumpete olw'e buvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Manase omugabo gumu. 5N'awali ensalo ya Manase, okuva ku lumpete olw'ebuvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Efulayimu omugabo gumu. 6N'awali ensalo ya Efulayimu, okuva ku lumpete olw'ebuvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Lewubeeni omugabo gumu. 7N'awali ensalo ya Lewubeeni, okuva ku lumpete olw'ebuvaisna okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Yuda omugabo gumu.8Era awali ensalo ya Yuda, okuva ku lumpete olw'ebuvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana, niiwo walibba ekitone kye muliwaayo, obugazi bwakyo engada emitwaalo ibiri mu nkumi itaanu n'o buwanvu nga bwekankana ogumu ku migabo, okuva ku lumpete olw'e buvaisana okutuuka ku lumpete olw'e bugwaisana: n'awatukuvu walibba mu ikyo wakati. 9Ekitone kye muliwaayo eri Mukama kiribba obuwanvu bwakyo engada emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu, n'o bugazi mutwaalo.10N'ekitone ekitukuvu kiribba ky'abo, kya bakabona; eri obukiika obugooda obuwanvu emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu, n'eri obugwaisana obugazi mutwalo, n'eri obuvaisana obugazi mutwalo, n'eri obukiika obulyo obuwanvu emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu: n'awatukuvu wa Mukama walibba wakati mu ikyo. 11Kiribba kya bakabona abatukuzibwa ab'oku bataane ba Zadoki, abaakuumanga ebyo bye nalagiire; abatawabire nga abaana ba Isiraeri bwe bawabire, nga Abaleevi bwe bawaba. 12Era kiribba gye bali ekitone ekitoolebwa ku kitone eky'ensi, ekintu ekitukuvu einu, awali ensalo ey'Abaleevi.13n'Abaleevi balibba n'ekitundu ekyekankana n'ensalo ya bakabona, obuwanvu emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu n'obugazi mutwalo: obuwanvu bwonabwona bulibba emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu n'obugazi mutwalo: 14So tibakitundanga so tebakiwaanyisyanga, so n'e bibala ebiberyeberye eby'ensi tibifuukanga bya bandi: kubanga kitukuvu eri Mukama.15N'enkumi eitaanu egifiikirewo mu bugazi mu maiso g'emitwalo eibiri mu nkumi itaanu giribba gya bantu bonabona okulya, gye kibuga, gyo kubbeerwamu era gye mbuga: era ekibuga kiribba wakati omwo. 16Era kuno niikwo kulibba okugerebwa kwawo; olumpete olw'obukiika obugooda enkumi ina mu bitaanu, n'olumpete olw'obukiika obulyo enkumi ina mu bitaanu, n'o ku lumpete olw'e buvaisana, enkumi ina mu bitaanu, n'olumpete olw'ebugwaisana enkumi ina mu bitaanu.17Era ekibuga kiribbaaku embuga; eri obukiika obugooda bibiri mu ataanu, n'eri obukiika obulyo bibiri mu ataanu, n'eri obuvaisana bibiri mu ataanu, n'eri obugwaisana bibiri mu ataanu. 18N'obuwanvu obufiikirewo obwekankana ekitone ekitukuvu bulibba mutwalo ebuvaisana n'o mutwalo ebugwaisana: era bulyekankana ekitone ekitukuvu; n'ebibala byamu biribba byo kulya eri abo abakola emirimu mu kibuga.19N'abo abakola emirimu mu kibuga ab'omu bika byonabyona ebya Isiraeri bakirimanga. 20Ekitone kyonakyona kiribba obugazi emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu n'obuwanvu emitwaalo ibiri mu enkumi itaanu: muliwaayo ekitone ekitukuvu nga kyekankana enjuyi gyonagyona, wamu n'obutaka obw'ekibuga.21N'ekitundu ekifiikirewo kiribba ky'o mulangira, okuliraana ekitone ekitukuvu eruuyi n'e ruuyi n'obutaka obw'ekibuga, mu maiso g'emitwalo ibiri mu nkumi itaanu obw'ekitone, okwolekera ensalo ey'e buvaisana, n'ebugwaisana mu maiso g'emitwalo ibiri mu nkumi itaanu okwolekera ensalo ey'e buvagwaisana, okwekankana emigabo, kye kiribba eky'omulangira n'ekitone ekitukuvu n'awatukuvu aw'enyumba biribba wakati omwo. 22Era ate okuva ku butaka obw'Abaleevi n'o kuva ku bataka obw'e kibuga, obuli wakati w'ekitundu eky'omulangira, wakati w'e nsalo ya Yuda n'e nsalo ya Benyamini, walibba wa mulangira.23N'ebika ebindi; okuva ku lumpete olw'ebuvaisana okutuuka ku lumpete olw'e bugwaisana; Benyamini omugabo gumu. 24N'awali ensalo ya Benyamini okuva ku lumpete olw'e buvaisana okutuuka ku lumpete olw'e bugwaisana; Simyoni omugabo gumu. 25N'a wali ensalo ya Simyoni okuva ku lumpete olw'ebuvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Isakaali omugabo gumu. 26N'a wali ensalo ya Isakaali okuva ku lumpete olw'e buvaisana okutuuka ku lumpete olw'e bugwaisana; Zebbulooni omugabo gumu.27N'a wali ensalo ya Zebbulooni okuva ku lumpete olw'ebuvaisana okutuuka ku lumpete olw'ebugwaisana; Gaadi omugabo gumu. 28N'awali ensalo ya Gaadi, ku lumpete olw'obukiika obulyo mu busimba bwabwo, ensalo eriva ku Tamali n'etuuka ku maizi ag'e Meribasukadeesi okutuuka ku kaiga ak'e Misiri okutuuka ku nyanza enene. 29Eyo niiyo nsi gye muligabanira n'o bululu ebika bya Isiraeri okubba obusika, era egyo niigyo migabo gyabwe kimu ku kimu, bw'atumula Mukama Katonda.30Era wano ekibuga we kikoma; ku lumpete olw'o bukiika obugooda engada enkumi ina mu bitaanu egigerebwa: 31n'emiryango egy'ekibuga giribba ng'amaina g'ebika bya Isiraeri; emiryango isatu egiringirira obukiika obugooda: omulyango gwa Lewubeeni gumu; omulyango gwa Yuda gumu; omulyango gwa Leevi gumu: 32n'o ku lumpete olw'ebuvaisana engada enkumi ina mu bitaanu; n'e miryango isatu: omulyango gwa Yusufu gumu; omulyango gwa Benyamini gumu; omulyango gwa Daani gumu:33n'o ku lumpete olw'o bukiika obulyo engada enkumi ina mu bitaanu egigereibwe; n'e miryango isatu: omulyango gwa Simyoni gumu; omulyango gwa Isakaali gumu; omulyango gwa Zebbulooni gumu: 34ku lumpete olw'e bugwaisana engada enkumi ina mu bitaanu, n'emiryango gyabwe isatu: omulyango gwa Gaadi gumu; omulyango gwa Aseri gumu; omulyango gwa Nafutaali gumu. 35Kiribba kye ngada mutwalo mu kanaana okwetooloola: n'e riina ery'e kibuga okuva ku lunaku olwo liribba nti Mukama ali omwo.
1Ekigambo kya Mukama ekyaiziire Yoweeri mutaane wa Pesweri. 2Muwulire kino, imwe abakaire, era mutege okitu, imwe mwenamwena abali mu nsi. Kino kyabbaire kibbairewo mu biseera byanyu oba mu biseera bya bazeiza? 3Mukikobere abaana banyu, n'abaana banyu bakikobere abaana baabwe, n'abaana baabwe ab'emirembe egindi.4Ebyo akawuka bye kafikiryewo enzige ebiriire; n'ebyo enzige bye yafikiryewo kalusejera kabiriire; n'ebyo kalusejjera bye kafikiryewo akaacaaka kabiriire.5Muzuuke, imwe abatamiivu, mukunge amaliga; mubboologe, imwe mwenamwena abanywa omwenge, olw'omwenge omuwoomereri; kubanga gumaliibwewo okuva ku munwa gwanyu. 6Kubanga eigwanga litabaire ensi yange, ery'amaani eritabalika: amainu niigo mainu ge mpologoma, era alina amaisongeryo ag'empologoma enkulu. 7Azikirye omuzabbibu gwange, era asasambwire omutiini gwange: agusasambuliire dala, era aguswire wala; amatabi gaagwo gafuukire meeru.8Kungubaga ng'omuwala ey'ebikire ebinyakinyaki bw'akungubagira ibaaye ow'omu buwala bwe. 9Ekiweebwayo eky'obwita n'ekiweebwayo eky'okunywa bimaliibwewo okuva mu nyumba ya Mukama; bakabona, abaweereza ba Mukama, bawuubaala. 10Enimiro ezikire, ensi ewuubaala; kubanga eŋaanu ezikire, omwenge omusu gukalire, amafuta gaweerera.11Mukwatibwe ensoni, imwe abalimi, muwowogane, imwe abawawaigula emizabbibu, olw'eŋaanu ne sayiri; kubanga ebikungulwa eby'omu nimiro bifiire. 12Omuzabbibu guwotokere, n'omutiini guyongobera; omukomamawanga n'olukindu n'omucungwa, emisaale gyonagyona egy'omu nimiro, giwotokere: kubanga eisanyu liwotokere okuva ku baana b'abantu.13Mwesibe ebinyakinyaki mukungubage, imwe bakabona; muwowogane, imwe abaweereza ab'ekyoto; mwize mugalamirire nga muvaire ebinyakinyaki mukyesye obwire, imwe abaweereza ba Katonda wange: kubanga ekiweebwayo eky'obwita n'ekiweebwayo eky'okunywa baguguba nabyo eri enyumba ya Katonda wanyu. 14Mutukulye okusiiba, mwete okukuŋaana okutukuvu, mukuŋaanyirye abakaire ne bonabona abali mu nsi eri enyumba ya Mukama Katonda wanyu, mumukungire Mukama.15Gitusangire olw'olunaku kubanga olunaku lwa Mukama lulikumpi okutuuka, era luliiza ng'okuzikirirya okuva eri Omuyinza w'ebintu byonabyona. 16Emere temaliibwewo ife nga tubona, niwo awo, eisanyu n'okujaguza okuva mu nyumba ya Katonda waisu? 17Ensigo givunda wansi w'amafunfugu gaagyo; ebideero birekeibeewo, amagisiro gasuuliibwe; kubanga eŋaanu ewotokere.18Ensolo nga gisinda! amagana g'ente gagoteibwe amagezi, kubanga gibula mwido; niiwo awo, ebisibo by'entama birekeibwewo. 19Ai Mukama, gwe nkungira: kubanga omusyo gwokyerye amaliisiryo ag'omu idungu, n'enimi gyaagwo gyookyerye emisaale gyonagyona egy'omu nimiro. 20Niwo awo, ensolo ez'omu nsiko gikuwankirawankira: kubanga emiiga egy'amaizi gikaliire, n'omusyo gwokyerye amalundiro ag'omu idungu.
1Mufuuwire eikondeere mu Sayuuni, era mulayirye ku lusozi lwange olutukuvu; bonabona abali mu nsi batengere: kubanga olunaku lwa Mukama lwiza, kubanga luli kumpi; 2olunaku olw'endikirirya n'ekikome, olunaku olw'ebireri n'endikirirya ekikwaite, ng'engamba bw'esalira ku nsozi; eigwanga einene era ery'amaani, tewabbangawo eribekankana, so tewalibbaawo ate oluvannyuma lwabwe, okutuusya ku myaka egy'emirembe emingi.3Omusyo gwokya mu maiso gaabwe; era enyuma waabwe enimi gy'omusyo gyaaka: ensi eri ng'olusuku lwa Adeni mu mberi yaabwe, n'e nyuma yaabwe idungu eryazikire so naye wabula eyabbaire abawonere.4Enfaanana yaabwe eri ng'enfaanana y'embalaasi; era ng'abeebagaire embalaasi bwe bairuka batyo embiro: 5Babuuka nga bawuuma ng'amagaali bwe gawuumira ku ntiiko gy'ensozi, ng'omusyo bwe guwuuma ogwokya ensambu ng'eigwanga ery'amaani erisimbire enyiriri olw'olutalo.6Olw'okwiza kwabwe abantu babalagalwa amaiso gonagona gafuukire eibala. 7Bairuka mbiro ng'abasaiza ab'amaani; baniina bugwe ng'abasaiza abalwani; era basimba buli muntu mu ngira ye, so tebasobya nyiriri.8So wabula eyeesiga mwinaye; basimba buli muntu mu mbitiro ye: era bawagulira awali ebyokulwanisya, so tebakoma mu lugendo lwabwe. 9Babuuka bagwa ku kibuga; bafubutukira ku bugwe; bawalampa ne batuuka mu nyumba; bayingirira mu madirisa ng'omubbiibi10Eitakali litengera mu maiso gaabwe; eigulu lijugumira, eisana n'omwezi bibbaaku endikirirya n'emunyeye girekayo okwaka kwagyo: 11era Mukama aleeta eidoboozi lye mu maiso g'eigye lye kubanga olusiisira lwe lunene inu kubanga oyo atuukirirya ekigambo kye wa maani: kubanga olunaku lwa Mukama lukulu, lwe ntiisya inu dala; era yani asobola okulusobola?12Era naye ne atyanu munkyukire n'omwoyo gwanyu gwonagwona, n'okusiiba n'okukaaba amaliga n'okuwuubaala: 13era mukanule omwoyo gwanyu so ti bivaalo byanyu, mukyukire Mukama Katonda wanyu: kubanga we kisa, era aizwire okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa inu ekisa, era yejusya obutaleeta bubbiibi.14Yani amaite oba nga taakyuke ne yejusya n'aleka omukisa enyuma we, niikyo kiweebwayo eky'obwita n'ekiweebwayo eky'okunywa eri Mukama Katonda wanyu?15Mufuuwire eikondeere mu Sayuuni, Mutukulye okusiiba, mwete okukuŋaana okutukuvu: 16mukuŋaanye abantu, mutukulye ekibiina, mukuŋaanye abakaire, muleete abaana abatobato n'abo abayonka amabeere: akwa omugole ave mu kisenge kye, n'omugole mu nyumba ye.17Bakabona, abaweereza ba Mukama, bakungire amaliga wakati w'ekisasi n'ekyoto, era batumule nti Saasira abantu bo, ai Mukama, so towaayo busika bwo okuvumibwa, amawanga okubafuga: kiki ekyabba kibatumulya mu mawanga nti Katonda waabwe ali waina?18Awo Mukama n'akwatirwa eiyali ensi ye, n'asaasira abantu be. 19Awo Mukama n'airamu n’akoba abantu be nti bona, ndibaweererya eŋaanu n'omwenge n'amafuta, era biribaikutya:20so tindibafuula ate ekivume mu mawanga: naye ndibatoolaku eigye ery'obukiika obwo mugooda ne nditwala wala, ne mbabbingira mu nsi enkalu eyalekebwewo, abakulembeze be mu nyana ey'ebuvanjuba, n'abasembi be mu nnyanza ey'ebugwaisana; n'ekivundu kye kiriniinirirwa, n'okuwunya kwe kuliniina, kubanga akolere bikulu.21Totya, iwe ensi, sanyuka ojaguze; kubanga Mukama akolere ebikulu. 22Temutya, imwe ensolo egy'omu nsiko; kubanga amaliisiryo ag'omu idungu galoka, kubanga omusaale gubala ebibala byagwo, omutiini n'omuzeyituuni gireeta amaani gaagyo. 23Kale musanyuke, imwe abaana ba Sayuuni, era mujaguzirye Mukana Katonda wanyu: kubanga abawa amaizi amatoigo mu kigera kyago ekisaana, era abatonyeserya amaizi amatoigo n'amaizi amasambya, mu mwezi ogw'oluberyeberye.24N'amawuuliro galiizula eŋaanu, n'amasogolero galiyiika omwenge n'amafuta. 25Era ndibairirya emyaka enzige gye yaliire, kalusejera n'akaacaaka n'akawuka, eigye lyange eringi lye nagabire okubatabaala.26Kale mwalyanga bingi inu, ne mwikuta, ne mutendereza eriina lya Mukama Katonda wanyu eyabakolere eby'ekitalo: n'abantu bange tebalikwatibwa nsoni enaku gyonagyona. 27Era mulimanya nga ndi wakati mu Isiraeri, era nga ndi Mukama Katonda wanyu, so wabula gondi: n'abantu bange tebalikwatibwa nsoni.28Awo olulituuka oluvannyuma ndifuka omwoyo gwange ku bonabona abalina omubiri; kale abataane banyu na bawala banyu baliragula, abakaire banyu baliroota ebirooto, abalenzi banyu balibona okwolesebwa: 29era no ku baidu no ku bazaana mu naku egyo kwe ndifuka omwoyo gwange.30Era kaisi eby'ekitalo mu igulu no mu nsi, omusaayi n'omusyo n'empagi egy'omwoka. 31Eisana lirifuuka ndikirirya, n'omwezi okuba omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga lukaali kwiza.32Awo olulituuka buli alisaba eriina lya Mukama alirokoka: kubanga ku lusozi Sayuuni no mu Yerusaalemi walibbaawo abo abaliwona, nga Mukama bwe yatumwire, no mu kitundu ekirifikkawo mulibbaamu abo Mukama b'alyeta.
1Kubanga, bona, mu naku egyo no mu biseera ebyo, bwe ndiiryawo obusibe bwa Yuda ne Yerusaalemi, 2ndikuŋaanya amawanga gonagona ne mbaserengetya mu kiwonvu kya Yekosafaati; kale ndiyema eyo ne mpozererya abantu bange n'obusika bwange Isiraeri be basaasaaniirye mu mawanga ne bagabana ensi yange. 3Era bakubbiire abantu bange obululu: era bawaireyo omulenzi olw'omukali omwenzi, ne batunda omuwala olw'omwenge, kaisi banywe.4Niiwo awo, mweena nfaayo ki eri imwe, imwe Tuulo ne Sidoni n'enjuyi gyonagyona egy'Obufirisuuti? Mulinsasula? n'okusasula bwe mulibba nga munsaswire, ndyanguya mangu ndisambyaku okwirya okusasula kwanyu ku mutwe gwanyu imwe. 5Kubanga mutwaire efeeza yange ne zaabu yange, ne mutwala mu bigwa byanyu ebintu byange ebisa ebisanyusa; 6era abaana ba Yuda n'abaana ba Yerusaalemi mwabagulirye abaana b'Abayonaani, mubaijulule okubatwala ewala n'ensalo yaabwe:7bona, ndibagolokokya mu kifo gye mwabatundire, era ndiirya okusasula kwanyu ku mutwe gwanyu imwe: 8era nditunda bataane banyu na bawala banyu mu mukono gw'abaana ba Yuda, n'abo balibagulya abasaiza b’e Seba, eigwanga eriri ewala: kubanga Mukama niiye akitumwire.9Mulangirire kino mu mawanga; mutegeke obulwa: mugolokokye abasaiza ab'amaani: abasaiza bonabona abalwani basembere, bambuke. 10Muweese embago gyanyu okubba ebitala, n'ebiwabyo byanyu okubba amasimu: omunafu atumule nti Ndi wa maanyi.11Mwanguwe mwize, imwe mwenamwena amawanga ageetoloire mukuŋaane: serengetya eyo ababo ab'amaani, ai Mukama:12Amawanga gayimuke gambuke mu kiwonvu kya Yekosafaati: kubanga eyo gye ndityama okusala omusango gw'amawanga gonagona ageetooloire. 13Muteekeewo ekiwabyo, kubanga ebikungulwa byengeire: mwize musambe; kubanga eisogolero lizwire, amabanvu gafufuka; kubanga obubbiibi bwabwe bungi.14Olugube, olugube, olugube lw'abantu bali mu kiwonvu eky'okumaliririramu! kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi mu kiwonvu eky'okumaliririramu. 15Eisana n'omwezi biriku endikirirya, n'emunyenye girekayo okwaka kwagyo.16Awo Mukama aliwuluguma ng'ayema e Sayuuni, alireeta eidoboozi lye ng'ayema e Yerusaalemi; n'eigulu n'ensi biritengera: naye Mukama alibba bwirukiro eri abantu be era ekigo eri abaana ba Isiraeri. 17Mutyo mulimanya nga nze ndi Mukama Katonda wanyu, abba ku Sayuuni olusozi lwange olutukuvu: kale Yerusaalemi kiribba kitukuvu so tewalibba banaigwanga abalikibitamu ate.18Awo olulituuka ku lunaku ludi ensozi giritonnya omwenge omuwoomereri n'obusozi bulikulukuta amata, n'obwiga bwonabwona obwa Yuda bulikulukuta amaizi; era ensulo eriva mu nyumba ya Mukama, erifukirira ekiwonvu Sitimu. 19Misiri eribba matongo, ne Edomu eribba idungu eryalekeibwewo, olw'ekyeju ekyakoleirwe abaana ba Yuda, kubanga bafukire omusaayi ogubulaku musango mu nsi yaabwe.20Naye Yuda alibbeerera enaku gyonagyona, ne Yerusaalemi okuva ku mirembe okutuuka ku mirembe gyonagyona. 21Era ndirongoosa omusaayi gwabwe gwe ntaalongooserye: kubanga Mukama abba ku Sayuuni.
1Ebigambo bya eyabbaire ow'oku basumba b’e Tekowa, bye yaboine ebya Isiraeri mu mirembe gya Uziya kabaka wa Yuda, no mu mirembe gya Yerobowaamu mutaane wa Yowaasi kabaka wa Isiraeri ng'ekaali esigaireyo emyaka ibiri okutuuka ku kikankanu ky'ensi. 2N'atumula nti Mukama aliwuluguma ng'ayema e Sayuuni, era alireeta eidoboozi lye ng'ayema e Yerusaalemi; kale amalisiryo ag'abasumba galiwubaala, n'entiiko ya Kalumeeri eriwotoka.3Ati bw'atumula Mukama nti Olw'ebyonoono bisatu ebya Damasiko, Niiwo awo, olw'ebina, tindikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaaku; kubanga bawiire Gireyaadi n'ebintu ebiwuula eby'ebyoma: 4naye ndiweereza omusyo mu nyumba ya Kazayeeri, kale gulyokya amayumba ga Benukadadi.5Era ndimenya ekisiba kya Damasiko, ne malawo oyo abba mu kiwonvu kya Aveni, n'oyo akwata omwigo ogw'obwakabaka ndimumalawo okuva ku nyumba ya Adeni: n'abantu ab'e Busuuli balyaaba mu busibe e Kiri, bw'atumula Mukama.6Ati bw'atumula Mukama nti Olw'ebyonoono bya Gaza bisatu, niiwo awo, olw'ebina, tindikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaaku; kubanga batwala nga basibe eigwanga lyonalyona okubawaayo eri Edomu: 7naye ndiweererya omusyo ku bugwe w'e Gaza, era gulyokya amanyumba gaakyo:8era ndimalawo abali mu Asudodi, n'oyo akwata omwigo ogw'obwakabaka ndimumalawo okuva ku Asukulooni: era ndikyusa omukono gwange okulwana ne Ekuloni, n'ekitundu ekifiikirewo eky'Abafirisuuti balizikirira, bw'atumula Mukama Katonda.9Ati bw'atumula Mukama nti Olw'ebyonoono bye Tuulo bisatu, niiwo awo, olw'ebina, tindikyusa kubonerezebwa kwakyo okukivaaku; kubanga bagabula eigwanga lyonalyona eri Edomu ne bataijukira ndagaanu ey'oluganda: 10naye ndiweererya omusyo ku bugwe w'e Tuulo, era gulyokya amanyumba gaakyo.11Ati bw'atumula Mukama nti Olw'ebyonoono bya Edomu bisatu, niiwo awo, olw'ebina, tindikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaaku; kubanga yayiganyanga mugande we n'ekitala, n'asuula okusaasira kwonakwona, obusungu bwe ne butaagulataagula enaku gyonagyona n'aguguba n'ekiruyi kye emirembe gyonagyona: 12naye ndiweereza omusyo ku Temani, era gulyokya amanyumba ag'e Bozula.13Ati bw'atumula Mukama nti Olw'ebyonoono eby'abaana ba Amoni bisatu, niiwo awo, olw'ebina, tindikyusa kubonerezebwa kwabwe okubavaaku; kubanga babaaye abakali abali ebida ab'e Giriyaadi, kaisi bagaziye ensalo yaabwe:14naye ndikuma omusyo mu bugwe w'e Bona, era gulyokya amanyumba gaakyo, nga baleekaana ku lunaku olw'olutalo, kibuyaga ng'aikunta ku lunaku olw'embuyaga egy'akampusi: 15era kabaka waabwe alyaaba mu busibe, iye n'abakungu be wamu, bw'atumula Mukama.
1Ati bw'atumula Mukama nti Olw'ebyonoono bya Mowaabu bisatu, niiwo awo, olw'ebina, tindikyusa kubonerezebwa kwakyo; kubanga yayokyere amagumba ga kabaka wa Edomu n'agafuula eikoke:2naye ndiweererya omusyo ku Mowaabu, era gulyokya amayumba ag'e Keriyoosi; era Mowaabu alifa, nga basasamala nga baleekaana nga bafuuwa eikondeere: 3era ndimalawo omulamuzi okuva wakati mu ikyo, era nditira abakungu baamu bonabona wamu naye, bw'atumula Mukama.4Ati bw'atumula Mukama nti Olw'ebyonoono bya Yuda bisatu, niiwo awo, olw'ebina, tindikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaaku; kubanga bagaine amateeka ga Mukama, so tebakwaite biragiro bye, n'eby'obubbeyi byabwe bibawabirye, bazeiza banyu bye basengereryanga mu kutambuia kwabwe: 5naye ndiweererya omusyo ku Yuda, era gulyokya amanyumba ag'e Yerusaalemi.6Ati bw'atumula Mukama nti Olw'ebyonoono bya Isiraeri bisatu, niiwo awo, olw'ebina, tindikyusa kubonerezebwa kwe okumuvaaku; kubanga batundire omutuukirivu olw'effeeza n'eyeetaaga olw'omugogo gw'engaito:7abawankirawankira enfuufu ey'oku nsi ey'oku mutwe gw'abaavu, ne bakyamya olugendo olw'abawombeefu: n'omusaiza no itaaye baliyingira eri omuwala mumu, okwonoona eriina lyange eitukuvu: 8era bagalamira ku mbali kwa buli kyoto ku ngoye gye basingirwa, no mu nyumba ya Katonda waabwe mwe banywiriire omwenge gw'abo be batangire.9Era naye nazikirirya Omwamoli mu mberi yaabwe, obuwanvu bwe bwabbaire ng'obuwanvu obw'emivule, era yabbaire wa maani ng'emyera; era naye nazikirirya ebibala bye engulu n'emizi gye wansi. 10Era nabaniinisya nga mbatoola mu nsi y'e Misiri ne mbaluŋamirya emyaka ana mu idungu, okulya ensi ey'Omwamoli.11Ne ngolokosya ku bataane banyu okubba banabbi, no ku balenzi banyu okubba Abawonge. Ti niikyo bwe kiri kityo, ai imwe abaana ba Isiraeri? bw'atumura Mukama. 12Naye ne muwa Abawonge omwenge okunywa; ne mulagira banabbi nga mutumula nti Temulagula.13Bona, ndibayingirya mu kifo kyanyu, ng'egaali erizwire ebinywa bwe linyigirirya. 14Awo okwiruka kuligota ow'embiro, so n'ow'amaani talitumula maani ge, so n'omuzira talyewonya:15so n'oyo akwata omutego talyemerera; era n'omwiruki w'embiro talyewonya waire n'oyo eyeebagala embalaasi talyewonya: 16n'oyo alina obugumu mu b'amaani aliiruka ng'ali bwereere ku lunaku olwo, bw'atumula Mukama.
1Muwulire ekigambo kino Mukama ky'abatumwireku, imwe abaana ba Isiraeri, ku kika kyonakyona kye naniinisirye nga nkitoola mu nsi y'e Misiri, ng'atumula nti 2Imwe mwenka be namanyire ku bika byonabona eby'ensi zonagyona: kyendiva mbabonereza olw'obutali butuukirivu bwanyu bwonabona.3Ababiri basobola okutambulira awamu wabula nga batabagaine? 4Empologoma ewulugumira mu kibira nga ebula muyiigo? empologoma entonto eyema mu mpuku yaayo okusinga nga ng'ebulaku ky'ekwaite?5Enyonyi esobola okugwa mu mutego ku nsi nga tebagitegeire kakuniryo? omutego gumasuka okuva wansi nga gubulaku kye gukwatisirye? 6Bafuwira eikondeere mu kibuga, abantu ne batatya? Obubbiibi bugwa ku kibuga, Mukama nga tabuleetere?7Mazima Mukama Katonda abulaku ky'alikola wabula ng'abikuliire abaidu be banabbi ekyama kye. 8Empologoma ewulugumire, yani ataatye? Mukama Katonda atumwire, yani asobola obutalagula?9Mulangirire mu manyumba mu Asudodi no mu manyumba mu nsi y'e Misiri, mutumule nti Mukuŋaanire ku nsozi egy'e Samaliya, mubone enjoogaano egiri omwo bwe gyekankana obungi, n'okujooga bwe kuli okuli omwo wakati. 10Kubanga tebamaite kukola bye nsonga, bw'atumula Mukama, abo abagisa ekyeju n'obunyagi mu manyumba gaabwe.11Mukama Katonda kyava atumula ati nti Walibbaawo omulabe, okwetooloola ensi enjuyi gyonagyona: naye aliikaikanya amaani go okukuvaaku, n'amayumba go galinyagibwa. 12Ati bw'atumula Mukama nti Ng'omusumba bw'awonyaaku mu munwa gw'empologoma amagulu amabiri oba ekitundu ky'ekitu; batyo abaana ba Isiraeri bwe baliwonyezebwa, abatyama mu Samaliya mu nsonda y'ekiriri no ku bigugu ebya aliiri eby'oku kitanda:13Muwulire mubbe abajulirwa eri enyumba ya Yakobo, bw'atumula Mukama Katonda, Katonda ow'eigye. 14Kubanga ku lunaku lwe ndibonereza Isiraeri olw'ebyonoono bye, era ndibonereza n'ebyoto bya Beseri, n'amaziga g'ekyoto galisalibwaku ne gagwa wansi.15Era ndikubba enyumba eya eitoigo wamu n'enyumba ey'ekyeya; n'enyumba egy'amasanga girigota, n'amanyumba amanene galikoma, bw'atumula Mukama.
1Muwulire ekigambo kino, imwe ente egy'e Basani, abali ku lusozi lwe Samaliya, abajooga abaavu, abakamula abeetaaga, abakoba bakama baabwe nti Muleete tunywe. 2Mukama Katonda alayiire obutukuvu bwe nga, Bona, enaku giribatuukaki lwe balibatolawo n'amalobo, n'ekitundu kyanyu ekirifikawo balibatoolawo n'amalobo agavuba.3Era mulivaamu nga mubita mu bituli ebiwagwirwe, buli nte ng'esimbira dala mu maiso gaayo; ne mwesuula mu Kalumooni, bw'atumula Mukama.4Mwize e Beseri mwonoone; mwize e Girugaali mutumule okwonoona kwanyu; era muleetenga sadaaka gyanyu buli makeeri n'ebitundu byanyu eby'eikumi buli naku eisatu; 5muweeyo sadaaka ey'okwebalya ku ebyo ebizimbulukuswa, mulangirire ebiweebwayo ku bwanyu mubiraalike: kubanga ekyo niikyo kye musiima, ai imwe abaana ba Isiraeri, bw'atumula Mukama Katonda.6Era nzeena mbawaire obulongoofu bw'amainu mu bibuga byanyu n'okubulwa emere mu manyumba ganyu gonagona: era naye temwiranga gye ndi, bw'atumula Mukama. 7Era nzeena mbaziyirirye amaizi, ng'ekaali esigaireyo emyezi isatu okutuusya amakungula: ne ntonyesya amaizi ku kibuga ekimu, ne nziyiza amaizi okutonnya ku kibuga ekindi: ekitundu kimu kyatonyeibweku, n'ekitundu ky'etaatonyeibweku ne kiwotoka.8Awo ab'omu bibuga ebibiri oba bisatu ne batambulatambula ne batuuka mu kibuga ekimu okunywa amaizi, so tebaikutanga: era naye temwiranga gye ndi, bw'atumula Mukama. 9Mbakubbire n'okugengewala n'obukuku: akasiisa kaliire olufulube lw'ensuku gyanyu n'ensuku gyanyu eg'yemizabbibu n'emitiini gyanyu n'emizeyituuni gyanyu: era naye temwiranga gye ndi, bw'atumula Mukama.10Mpeereirye mu imwe kawumpuli ng'engeri ey'e Misiri bwe yabbaire: abalenzi banyu mbaitire n'ekitala, ne ntoolawo embalaasi gyanyu; ne ninisirye no mu nyindo gyabwe okuwunya kw'olusiisira lwanyu: era naye temwiranga gye ndi, bw'tumula Mukama. 11Nswire abamu ku imwe nga Katonda bwe yaswire Sodomu ne Gomola, mweena ne mubba ng'olugada ogusiikibwa mu musyo: era naye temwiranga gye ndi, bw'atumula Mukama.12Kyendiva nkukola nti, ai Isiraeri: era kubanga ndikukola kino, weeteeketeeke okusisinkana no Katonda wo, ai Isiraeri. 13Kubanga, bona, oyo abbumba ensozi, era atonda embuyaga, era abuulira omuntu by'alowooza, afuula amakeeri okubba endikirirya, era aniina ku bifo ebigulumivu eby'ensi; Mukama Katonda ow'eigye niiryo eriina lye.
1Muwulire ekigambo kino kye nkwata okubakungubagira, ai enyumba ya Isiraeri. 2Omuwala wa Isiraeri agwire; takaali ayimuka ate: asuuliibwe wansi ku nsi ye wabula wo kumuyimusya.3Kubanga ati bw'atumula Mukama Katonda nti Ekibuga ekyavangamu olukumi kirisigalyawo kikumi, n'ekyo ekyavangamu ekikumi kirisigalyawo ikumi, eri enyumba ya Isiraeri.4Kubanga ati Mukama bw'akoba enyumba ya Isiraeri nti Munsagire, kale mwabbanga balamu: 5naye temunsagiranga Beseri, so temuyingiranga mu Girugaali, so temubitanga okwaba e Beeruseba: kubanga Girugaali tekirirema kwaba mu busibe, no Beseri kiriwaawo.6Musagire Mukama, kale mwabbanga balamu; aleke okubuubuuka ng'omusyo mu nyumba ya Yusufu, ne gwokya so nga wabula wo kugulikirya mu Beseri: 7imwe abafuula omusango okubba obusinso, ne musuula wansi obutuukirivu;8musagire oyo akola kakaaga n'entungalugoye, era afuula ekiwolyo eky'okufa okubba amakeeri, era asiikirirya omusana n'obwire; ayeta amaizi ag'omu nyanza n'agafuka ku maiso g'olukalu; Mukama lyo liina lye; 9aleeta okuzikirira ku w'amaani nga tamanyirire, okuzikirira ne kutuuka ku kigo.10Bakyawa oyo anenya mu mulyango, era batamwa oyo ayogera ebigolokofu. 11Kale kubanga muniinirira omwavu, ne mumukamula eŋaano: mwazimbire enyumba egy'amabbaale amateme, naye temuligityamamu; mwasimbire ensuku gy'emizabbibu egisanyusa, naye temulinywa mwenge gwamu.12Kubanga maite ebyonoono byanyu bwe byekankana obungi n'ebibbiibi byanyu bwe byekankana amaani imwe ababonyaabonya omutuukirivu, abalya enguzi, era abasengererya abo abeetaaga mu mulyango. 13Omukabakaba kyaliva asirika mu biseera ebifaanana bityo; kubanga niibyo ebiseera ebibbiibi.14Musagire obusa so ti bubbiibi, kaisi mubbenga abalamu: kale Mukama Katonda ow'eigye yabanga naimwe nga bwe mutumula. 15Mukyawenga obubbiibi, mutakenga obusa, munywezenga eby'ensonga mu mulyango: koizi Mukama Katonda ow'eigye alikwatirwa ekisa ekitundu kya Yusufu ekifikirewo.16Mukama Katonda ow'eigye, Mukama kyava atumula ati nti Ebiwoobe biribba mu nguudo gyonagyona engazi era balitumulira mu mangira gonagona nti Woowe, woowe! kale balyeta omulimi okukubba ebiwoobe, n'abo abalina amagezi okukungubaga okukubba ebiwoobe. 17Awo mu nsuku gyonagyona egy'emizabbibu mulibbaamu ebiwoobe: kubanga ndibita mu iwe wakati, bw'atumula Mukama.18Zibasangire imwe abeegomba olunaku lwa Mukama! mutakira ki olunaku lwa Mukama? endikirirya so ti musana. 19Kwekankana omusaiza ng'airuka empologoma, n'asisinkana pyoko n'esisinkana naye: oba ng'ayingira mu nyumba ne yeekwata ku kisenge omukono gwe omusota ne gumuluma. 20Olunaku lwa Mukama terulibba ndikirirya so ti musana? endikirirya zigizigi so nga mubula katangaala?21Nkyawa, nyooma embaga gyanyu, so tindisanyukira kukuŋaana kwanyu okutukuvu. 22Niiwo awo, waire nga muwaayo gye ndi ebiweebwayo byanyu ebyokyebwa n'ebiweebwayo byanyu eby'obwita, tindibiikirirya: so tinditeekayo mwoyo eri ebiweebwayo olw'emirembe eby'ensolo gyanyu egya sava.23Ntoolaku oluyoogaano olw'enyembo gyo; kubanga timpulire nanga gyo bwe gikubbibwa okusa. 24Naye omusango gukulukute ng'amaizi, n'obutuukirivu ng'omwiga ogw'amaani.25Mwandeeteranga sadaaka n'ebiweebwayo mu idungu emyaka ana, ai enyumba ya Isiraeri? 26Niiwo awo, mwasitulanga Sikusi kabaka wanyu no Kiyuni, ebifaananyi byanyu, emunyeenye ya katonda wanyu, bye mwekolera.27Kyendiva mbatwalya mu busibe okubita e Damasiko, bw'atumula Mukama, eriina lye Katonda ow'eigye.
1Gibasangire abo abeegoloire mu Sayuuni n'abo ababulaku kye batya ku lusozi lw’e Samaliya, abasaiza ab'amaani ab'omu igwanga erisinga amawanga obukulu, abaizirwa enyumba ya Isiraeri! 2Mubite mwabe e Kalune mubone; muveeyo mwabe e Kamasi ekikulu: kaisi muserengete e Gaasi eky'Abafirisuuti: bisinga obwakabaka buno bwombiri obusa? oba ensalo yaabwe esinga ensalo yanyu obugazi?3Imwe abateeka ewala olunaku olubbiibi ne musemberya kumpi entebe ey'ekyeju; 4abagalamira ku bitanda eby'amasanga ne beegolorera ku biriri byabwe, ne balya abaana b'entama ab'omu kisibo, n'enyana nga bagitoola mu kisibo;5abayembere enyembo egibulamu ku idoboozi ery'enanga; abeegunjiire ebintu ebivuga nga Dawudi; 6abanywira omwenge mu bibya, ne basaaba amafuta agasinga obusa; naye tebanakuwaliire kubonyaabonyezebwa kwa Yusufu.7Kale kyebaliva baaba mu busibe wamu n'abo abaasooka okwaba mu busibe, n'ebinyumu by'abo abeegolola birivaawo. 8Mukama Katonda yeerayiire yenka, bw'atumula Mukama Katonda ow'eigye, nti Nkyawa obusa bwa Yakobo, ne ntamwa amanyumba ge: kyendiva mpaayo ekibuga ne byonabona ebikirimu.9Awo olulituuka abantu ikumi bwe balisigala mu nyumba eimu balifa. 10Era omuntu bw'eyasitulibwa koiza we, oyo amwokya, okuya amagumba mu nyumba, n'akoba oyo ali mu njuyi ej'enyumba egy'omukati nti Wakaali waliwo ali naiwe? naye n'airamu nti Bbe; kale kaisi n'atumula nti Sirika; kubanga tetusobola kwatula liina lya Mukama.11Kubanga, bona, Mukama alagiire, n'enyumba enene eriwagulwamu ebituli n'ennyumba entono eribaamu enjatika.12Embalaasi giriirukira mbiro ku lwazi? omuntu alirimira okwo n'ente? Imwe okufuula ne mufuula omusango okubba omususa n'ebibala eby'obutuukirivu okubba abusinso: 13imwe abasanyukira ekintu ekibulaku kye kigasa, abatumula nti Titwefuniire mayembe olw'amaani gaisu ife?14Kubanga, bona, ndibayimusiryaku eigwanga, ai enyumba ya Isiraeri, bw'atumula Mukama Katonda ow'eigye; era balibabonyaabonya okuva awayingirirwa e Kamasi
1Atyo Mukama Katonda bwe yandagire: era, Bona, yabbumbire enzige ebimerereri nga bitanwire okumera; era, Bona, byabbaire bimerereri okukungula kwa kabaka nga kuweire. 2Awo olwatuukire bwe guamalire okulya omwido ogw'omu nsi kaisi ntumula nti Ai Mukama Katonda, sonyiwa, nkwegayiriire: Yakobo yayemerera atya? kubanga mutono. 3Mukama ne yejusa olw'ekyo: Tekiribbaawo, bw'atumula Mukama.4Atyo Mukama Katonda bwe yandagire: kale, bona, Mukama Katonda n'ayeta abantu okuwakana n'omusyo; ne gwokya obuliba obunene, era gwandimalirewo n'olukalu. 5Awo kaisi ne ntumula nti Ai Mukama Katonda, lekayo, nkwegayiriire: Yakobo yayinza atya okwemerera? kubanga mutono. 6Awo Mukama ne yejusa ekyo: Era n'ekyo tekiribbaawo, bw'atumula Mukama Katonda.7Atyo bwe yandagire: kale, bona, Mukama n'ayemereire ku mbali kw'ekisenge ekyazimbiibwe n'empunga epima, era ng'akwaite omugwa ogupima mu mukono gwe. 8Awo Mukama n'ankoba nti obona ki? Ne nkoba nti Omuguwa ogupima. Awo Mukama n'atumula nti Bona, nditeeka omuguwa ogupima wakati w'abantu bange Isiraeri; tindibabitaku ate lwo kubiri:9n'ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birirekebwawo, n'ebifo ebitukuvu ebya Isiraeri birizikibwa; era ndigolokokera ku nyumba ya Yerobowaamu n'ekitala.10Awo Amaziya kabona ow'e Beseri n'atumira Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri ng'atumula nti akwekobeire wakati mu nyumba ya Isiraeri: ensi teyinza kugumiinkiriza bigambo niiby byonbyona. 11Kubanga bw'atumula ati nti Yerobowaamu alifa n'ekitala, era Isiraeri talireka kutwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.12Era Amaziya n'agamba nti iwe omuboni, yaba weirukire mu nsi ya Yuda, oliire eyo emere, olagulire eyo: 13naye tolagulanga ate lwo kubiri e Beseri: kubanga nookyo ekifo ekitukuvu ekya kabaka, era niiyo enyumba ya kabaka.14Awo kaisi nairamu n'akoba Amaziya nti Nabbaire tindi nabbi, so tinabbaire mwana wa nabbi; naye nabbaire musumba era musalili w'emisukomooli: 15Mukama n'antoola ku mulimu ogw'okusengererya ekisibo, Mukama n'ankoba nti yaba olagule abantu bange Isiraeri.16Kale wulira ekigambo kya Mukama: Otumula nti Tolagulanga ku Isiraeri, so totonyesyanga ku nyumba ya Isaaka; 17Mukama kyava atumula ati nti Mukali wo alibba mwenzi mu kibuga, ne batataane bo na bawala bo baligwa n'ekitala, n'ensi yo erigabibwa n'omugwa; weena mweene olifiira mu nsi eteri nongoofu, era Isiraeri talireka okutwalibwa nga omusibe okuva mu nsi ye.
1Atyo Mukama Katonda bwe yandagire: era, bona, ekiibo eky'ebibala eby'omu kyeya. 2N'atumula nti, obona ki? Ne ntumula nti Mbona ekiibo eky'ebibala eby'omu kyeya. Awo Mukama kaisi n'ankoba ba nti Enkomerero etuukire ku bantu bange Isiraeri; tindibabitaku ate lwo kubiri. 3Awo enyembo egy'omu yeekaalu giribba kuwowogana ku lunaku olwo, bw'atumula Mukama Katonda: emirambo giribba mingi; baligisuula mu buli kifo nga basirikire.4Muwulire kino, ai imwe abataka okuliira dala eyeetaaga n'okumalawo abaavu ab'omu nsi, nga mutumila nti 5Omwezi ogwakaboneka guliwaaki di, kaisi tutunde eŋaanu? ne sabbiiti, tusumulule eŋaanu? nga mutoniwalya efa, era nga munenewalya sekeri, era nga mulyazaamaanya ne minzaani egy'obubbeyi; 6tugule abaavu n’efeeza, n'abeetaaga n'omugogo gw'engaito, era tutunde ebisasiro by'eŋaanu.7Mukama alayiire obusa bwa Yakobo nti Mazima tinerabirenga bikolwa byabwe ne kimu enaku gyonagyona. 8Ensi teritengerera ekyo, buli muntu n'awuubaala abba omwo? Niiwo awo, eritumbiirira dala wamu nga Omwiga; era eritabanguka n'eika ate nga Omwiga ogw'e Misiri.9Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'atumula Mukama Katonda, ndigwisya eisana mu ituntu, era ndireeta endikikirirya ku nsi obwire nga butangaala. 10Era ndifuula embaga gyanyu okubba okuwuubaala, n'enyembo gyanyu gyonagyona okubba okukungubaga; era ndireeta ebinyakinyaki ku nkende byonabyona, n'empaata ku buli mutwe; era ndirufuula ng'okukungubagira omwana eyazaaliibwe omu, n'enkomerero yaalwo ng'olunaku olubalagala.11Bona, enaku giiza, bw'atumula Mukama Katonda, lwe ndiweererya enjala mu nsi, eteri njala ye mere waire enyonta ey'amaizi, naye enjala ey'okuwulira ebigambo bya Mukama. 12Awo balibulubuuta okuva ku nyanza okutuuka ku nyanza egendi, n'okuva obukiika obugooda okutuuka ebuvaisana; baliiruka mbiro eruuyi n'eruuyi okusagira ekigambo kya Mukama, so tebaikibonaba.13Ku lunaku olwo abawala abasa n'abalenzi balizirika olw'enyonta. 14Abalayira ekibbiibi kya Samaliya ne batumula nti Nga Katonda wo, ai Daani, bw'ali omulamu; era nti Ng'engira ya Beeruseba bw'eri enamu; abo baligwa so tebaliyimuka ate.
1Naboine Mukama ng'ayemereire ku mbali kw'ekyoto: n'atumula nti Kubba emitwe, emiryango gikankane: era bamenyeemenye ku mitwe gy'abo bonabona; era ndiita n'ekitala ow'enkomerero ku ibo: tewalibba ku ibo aliiruka, so tewalibba ku ibo aliwona n'omumu. 2Waire nga basima okutuuka mu magombe, omukono gwange gulibatoolayo; era waire nga baniina okutuuka mu igulu, ndibateeka okubatoolayo.3Era waire nga beegisira ku ntiiko ya Kalumeeri, ndikeneenya ne mbatoolayo; era waire nga bagisiibwe amaiso gange mu buliba bw'enyanza wansi, ndiragirira eyo omusota ne gubaluma. 4Era waire nga baaba mu busibe mu maiso g'abalabe baabwe, ndiragirira eyo ekitala ne kibaita: era nditeeka amaiso gange ku ibo olw'okuleeta obubbiibi so ti busa.5Kubanga Mukama, Katonda ow'eigye, niiye oyo akoma ku nsi n'esaanuuka, ne bonabona abagibbamu baliwuubaala; era eritumbiirira dala wamu nga Omwiga; era eriika ate nga Omwiga ogw'e Misiri; 6niiye oyo azimba amanyu ge mu igulu, era eyateekerewo eibbanga lye ku itakali; ayeta amaizi ag'omu nyanza n'agafuka ku maiso g'olunalu; Mukama niilyo eriina lye.7Imwe temuli ng'abaana b'Abaesiyopya gye ndi, ai abaana ba Isiraeri? bw'atumula Mukama. Tinatoire Isiraeri mu nsi y'e Misiri ne mbaniinisya, ne ntoola Abafirisuuti e Kafutoli, n'Abasuuli e Kiri? 8Bona, amaiso ga Mukama Katonda gali ku bwakabaka obulina ebibbiibi, era ndibuzikirirya okuva ku maiso g'eitakali; kyoka tindizikiririrya dala nyumba ya Yakobo, bw'atumula Mukama.9Kubanga, bona, ndiragira era ndikonjera enyumba ya Isiraeri mu mawanga gonagona, ng'eŋaanu bw'ekonjerwa mu lugali, naye tewalibba na kaweke na kamu akaligwa ku itakali. 10Abalina ebibbiibi bonabona ab'omu bantu bange balifa n'ekitala abatumula nti Obubbiibi tebulitutuukaku so tebulitutangira.11Ku lunaku olwo ndisimba eweema ya Dawudi eyagwire, ne nziba ebituli byayo; era ndisimba ebibye ebyagwire, era ndigizimba nga mu naku egy'eira; 12kaisi balye ekitundu kya Edomu ekifiikirewo, n'amawanga gonagona agatuumibwa eriina lyange, bw'atumula Mukama akola kino.13bona, enaku giiza, bw'atumula Mukama, akabala lw'alituuka ku oyo akungula, n'oyo asamba eizabbibu lw'alituuka ku oyo asiga ensigo; n'ensozi giritonya omwenge omuwoomereri, n'obusozi bwonabwona bulisaanuuka.14Era ndiiryawo obusibe bw'abantu bange Isiraeri, kale balizimba ebibuga ebyalekeibwrwo, ne babityamamu; era balisimba ensuku egy'emizabbibu, ne banywa omwenge gwamu; era balirima enimiro, ne balya ebibala byamu. 15Era ndibasimba ku nsi yaabwe, so tebalisimbulwa ate mu nsi gye mbawaire, bw'atumula Mukama Katonda wo.
1Okwolesebwa kwa Obadiya. Ati bw'atumula Mukama Katonda ku Edomu; nti Tuwuliire ebigambo ebiva eri Mukama n’omubaka atumiibwe eri amawanga nti Muyimuke, tuyimuke ku nsi ye tulwane naye. 2Bona, nkufiire omutomuto mu mawanga; onyoomebwa inu iwe.3Amalala ag'omu mu mwyo gwo gakukyamirye, iwe azimba mu biwuku eby'omu lwazi, iwe atyama waigulu; atumula mu mwoyo gwe nti Yani alinjikya wansi? 4Waire ng'oliina mu igulu ng'eikokoma era ekisu kyo nga kiteekebwa wakati mu munyeenye, ndikwikya wansi ove eyo; bw'atumula Mukama.5v 5 Oba ababbiibi baiza gy'oli, oba abanyagi obwire (so nga ozikirira!) tebandibbire by kubamala? oba abanogi b'eizabbibu baiza gy'oli, tebandirekere izabbibu eigerebwawo? 6Ebya Esawu nga bisagiribwa, ebigisiibwe iye nga bivumbuka!7Abantu bonabona abalagaanire gy'oli bakuwerekeire okutuuka ku nsalo; abantu ababbaire balina emirembe naiwe bakukyamirye era bakulemere; abaalya emmere yo batega omutego wansi wo; so mubula kutegeera mu iye. 8Ku lunaku ludi tinjaba kuzikirirya abagezigezi bave mu Edomu n'okutegeera kuve mu lusozi lwa Esawu? bw'atumula Mukama. 9Era abazira bo; iwe Temani, balyekanga buli muntu kaisi atolebwe mu lusozi lwa Esawu era aitibwe.10Kubanga wakoleire amaani mugande wo Yakobo, ensoni girikukwata era olitoolebwawo emirembe gyonagyona. 11Ku lunaku lwe wayemereire ku mbali, ku lunaku abayise lwe baanyagire ebintu bye n'abageni lwe baayingiire mu njigi gye egya wankaaki ne bakubba akalulu ku Yerusaalemi, weena n'ofaanana ng'omumu ku abo.12Naye totunuulira lunaku lwa mugande wo ku lunaku olw'okutoolewaku akabbiibi, so tosanyuka olw'abaana ba Yuda ku lunaku olw'okuzikirira kwabwe; so teweekulirye n'omunwa gwo ku lunaku olw'akabbiibi. 13Toyingiranga mu lwigi olwa wankaaki olw'abantu bange ku lunaku mwe balibonera enaku; so weena tolingiriranga kabbiibi kaabwe ku lunaku mwe balibonera enaku so temukwatanga ku bintu byabwe ku lunaku mwe balibonera enaku. 14So toyemereranga mu masaŋangira okuzikirirya abantu be abawona; so towangayo bantu be abasigalawo ku lunaku olw'akabbiibi.15Kubanga olunaku lwa Mukama lusembereire amawanga gonagona: nga bwe wakolere kityo bwe kirikukolebwa iwe; by'okola biriira ku mutwe gwo. 16Kubanga bwe mwanywiranga ku lusozi lwange olutukuvu, kityo amawanga gonagona bwe ganywanga enaku gyonagyona; niiwo awo, ganywanga gamiranga galibba ng'agatabnangawo.17Naye ku lusozi Sayuuni kulibaaku abawona, era lulibba lutukuvu; n'enyumba ya Yakobo eribba n'ebintu byabwe. 18Era enyumba ya Yakobo eribba musyo n'enyumba ya Yusufu eribba lulimi olw'omusyo n'enyumba ya Esawu nsambu, boona balyaka gye bali, balibazikirirya; so tewalibba muntu wo mu nyumba ya Esawu alisigalawo; kubanga Mukama niiye akitumwire.19N'olusozi lwa Esawu lulifuuka lw'abo ab'obukiika obugooda; ensi y'Abafirisuuti eribba y'abo ab'ensenyu; era ibo balirya enimiro ya Efulayimu, n'enimiro ey'e Samaliya: era Gireyaadi eribba ya Benyamini.20N'abo ab'eigye lino ery'abaana ba Isiraeri abafugibwa obwidu abali mu Bakanani, baliba n'ensi okutuuka ku Zalefaasi; n'abo ab'omu Yerusaalemi abafugibwa obwidu abali mu Sefalaadi balibba n'ebibuga eby'obukiika obuliiro. 21Era abalokozi baliniina ku lusozi Sayuuni basalire olusozi lwa Esawu omusango; n'obwakabaka bulibba bwa Mukama.
1Awo ekigambo kya Mukama kyaizire eri Yona, omwana wa Amittayi, nga kitumula nti 2Golokoka, oyabe e Nineeve ekibuga ekyo ekinene okirangirire; kubanga obubbiibi bwabwe buniinire butuukire mu maiso gange. 3Naye Yona n'agolokoka okwirukira e Talusiisi okuva mu maiso ga Mukama; n'aserengeta e Yopa n'abona ekyombo nga kyaba e Talusiisi; awo n'abawa empooza yaakyo n'asaabala omwo okwaba nabo e Talusiisi ave mu maiso ga Mukama.4Naye Mukama n'asindika empewo enyingi ku nyanza, omuyaga omungi ne gubba ku nyanza ekyombo ne kitaka okumenyeka. 5N'abo abaavuga ne batya ne bakungirira buli muntu katonda we; ne basuula mu nyanza ebintu ebyabbaire mu kyombo bakiwewule. Naye Yona yabbaire ng'aikirele mu kisenge eky'omu kyombo, ng'agalamiire, agonere endoolo.6Awo omubbinga w'ekyombo n'aiza gy'ali n'amukoba nti Obbaire otya, iwe omugoni? golokoka, osabe Katonda wo, era koizi Katonda yatwijukira tuleke okuzikirira. 7Ne batumula buli muntu no mugande we nti Iza tukubbe akalulu kaisi tutegeere gwe tulangibwa akabbiibi kano okutubbaaku. Awo ne bakubba akalulu, akalulu ne kagwa ku Yona.8Awo ne bamukoba nti Kale tukobere iwe tulangibwa akabbiibi kano okutubbaaku; omulimu gwo mulimu ki? ova waina? ensi yanyu nsi ki? ekika kyanyu kika ki? 9N'abakoba nti Ndi Mwebbulaniya; ntya Mukama, Katonda ow'omu igulu eyakobere enyanza n'olukalu. 10Awo abantu ne batya inu ne bamukoba nti Kino kiki ky'okolere iwe? Kubanga abantu baamanyire nti airukire mu maiso ga Mukama, kubanga yabbaire ng'abakobeire.11Awo ne bamukoba nti Twakukola tutya enyanza etuteekere? kubanga enyanza yabbaire ng'eyaba yeeyongera okufuukuuka inu. 12N'abakoba nti Munsitule munsuule mu nyanza; kale enyanza yabateekera; kubanga maite nti omuyaga guno omungi gubakwaite okubalanga nze. 13Naye abantu ne bavuga inu okwirayo okugoba eitale; naye ne batasobola; kubanga enyanza yayabire yeeyongera bweyongeri okufuukuuka okubaziyiza.14Kyebaaviire bakungirira Mukama ne batumula nti Tukwegayirire, ai Mukama, tukwegayirire tuleke okuzikirira ku lw'obulamu obw'omuntu ono; so totutewkaku musaayi ogubulaku musango; kubanga iwe, ai Mukama, niiwe okolere ky'otaka. 15Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nyanza; awo omuyaga ogwabbaire ku nyanza ne gufa. 16Awo abantu ne batya inu Mukama; ne bawaayo sadaaka eri Mukama ne beeyama obweyamu.17Mukama n'ateekateeka ekyenyanza ekinene kimike Yona; Yona n'amala mu kida olw'ekyenyanza enaku isatu emisana n'obwire.
1Awo Yona n'asaba Mukama Katonda we mu kida olw'ekyenyanza. 2N'ayogera nti Nakungiriire Mukama kubanga naboine enaku, N'angiramu; Mu kida ky'emagombe nakoowoire; N'owulira eidoboozi lyange.3Kubanga wanswire mu buliba, mu mwoyo ogw'enyanza, Amataba ne ganeetooloola; Amayengo go gonagona n'amasingiisira go gaabitire waigulu ku nze. 4Ne ntumula nti Mbingiibwe mu maiso go; Naye nalingiriire ate yeekaalu yo entukuvu.5Amaizi gansaanikira, era okutuuka ku bulamu; Obuliba bwaneetooloire; Endago gyambikire ku mutwe gwange. 6Ne njika ensozi we gisibuka; Ensi n'ebisiba byayo ne binjigalira emirembe gyonagyona; Naye otoiremu obulamu bwange mu bwina, ai Mukama, Katonda wange.7Emeeme yange bwe yazirikire mu nze, ne njijukira Mukama; N'okusaba kwange ne kutuuka gy'oli, mu yeekaalu yo entukuvu. 8Abo abateekayo omwoyo ku by'obubbeyi ebibulamu balekayo okusaasirwa kwabwe.9Naye nze naakuwa sadaaka yange n'eidoboozi ery'okwebalya; Nasasula obweyamu bwange. Obulokozi buva eri Mukama. 10Awo Mukama n'alagira ekyenyanza ne kisesema Yona ku lukalu.
1Awo ekigambo kya Mukama ne kiiza eri Yona omulundi ogw'okubiri, nga kitimula nti 2Golokoka, oyabe e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okibuulirire okubuulira kwe nkukoba. 3Awo Yona n'agolokoka n'ayaba e Nineeve nga Mukama bwe yamukobere. Era Nineeve kyabbaire kibuga kinene inu dala olugendo lwe naku isatu okukibunisia.4Yona n'asooka okuyingira mu kibuga n'atambula olugendo lwo lunaku lumu n'atumulira waigulu n'akoba nti Enaku ana bwe giribitawo, Nineeve kirizikirira. 5Abantu ab'omu Nineeve ne baikirirya Katonda ne balangirira okusiiba ne bavaala ebibukutu, bonabona okuva ku mukulu okutuuka ku mutomuto.6Ebigambo ne bituuka ku kabaka ow'e Nineeve, n'agolokoka ku ntebe n'ayambulamu ekivaalo kye ne yeebikaku ebibukutu n'atyama mu ikoke. 7N'alangirira n'abuulira okubunisya Nineeve olw'eiteeka lya kabaka n'abakungu be, n'akoba nti Omuntu n'ensolo, eigana n'ekisibo, bireke okulega ku kintu; bireke okulyaku n'okunywa amaizi;8naye babiikibwe ebibukutu, omuntu era n'ensolo, bakungirire inu dala Katonda; era bikyuke, buli kintu mu ngira yakyo embiibbi no mu kyeju ekiri mu mikono gyabyo. 9Yani amaite nga Katonda alikyuka alyejusa, n'akyuka okuleka obusungu bwe obukambwe tuleke okuzikirira?10Katonda n'abona emirimu gyabwe nga bakyukire mu ngira yabwe ebbiibi; Katonda ne yejusa obubbiibi bwe yabbaire atumwire okubakola; n'atabubakola.
1Naye Yona n'atasiima n'akatono n'anyiikaala. 2N'asaba Mukama n'atumula nti Nkusaba, ai Mukama, tinatumwire ntyo nga nkaali mu nsi y'ewaisu. Kyenaviire nyanguwa okwirukira e Talusiisi; kubanga nategeire nti oli Katonda musa aizwire okusaasira alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era ataleeta bubbiibi. 3Kale, ai Mukama, nkwegayiriire, ontooleku obulamu bwange; kubanga waakiri nfe okusinga okuba omulamu.4Mukama n'atumula nti iwe okolere kusa okusunguwala? 5Awo Yona n'afuluma mu kibuga n'atuula ku luuyi olw'ekibuga olwolekeire ebuvaisa n'asiisira eyo ekisiisira n'atuula omwo mu kisiikirize kyakyo okutuusia lw'alibona ekibuga bwe kiribba.6Mukama Katonda n'ategeka ekisuuswa n'akimerya awali Yona nafuna ekiwolyo ku mutwe gwe, kimuwonye enaku gye yabbaire aboine. Awo Yona n'asanyuka inu olw'ekiryo. 7Naye Katonda n'ategeka ekiwuka obwire bwe bwakyeire amakeeri, ne kiruma ekisuuswa ne kiwotoka.8Awo olwatuukire eisana bwe lyaviireyo, Katonda n'ategeka embuyaga ez'obuvaisana egy'eibbugumu, omusana ne gwokya Yona mu mutwe gwe, n'azirika n'asaba afe, n'atumula nti Waakiri nfe okusinga okubba omulamu. 9Katonda n'akoba Yona nti iwe okolere kusa okusunguwala ku lw'ekisuuswa? N'atumula nti Nkolere kusa okusunguwala okutuusa lwe ndifa.10Mukama n'atumula nti Osaasiire ekisuuswa kyotakoleire mulimu so ky'otaamererye; ekyamerere obwire obumu, ne kikulira obwire bumu; 11nange tinandisaasiire Nineeve, ekibuga ekyo ekinene; omuli abantu akasiriivu mu obukumi obubiri n'okusukirirawo abatasobola kwawula mukono gwabwe omulyo n'omukono gwabwe ougooda; era n'ensolo enyingi?
1Ekigambo kya Mukama ekyaizire eri Miika, Omumolasuuti, mu mirembe gya Yosamu, Akazi, no Keezeekiya, bakabaka ba Yuda, kye yaboine ku Samaliya no ku Yerusaalemi.2Muwulire, imwe ab'amawanga mwenamwena; tega amatu go, iwe ensi, n'ebyo byonabyona ebirimu; Mukama Katonda abbe mujulizi eri imwe, Mukama ng'ayema mu yeekaalu ye entukuvu. 3Kubanga, bona, Mukama ava mu kifo kye, aliika alitambulira ku bifo ebigulumivu eby'ensi. 4N'ensozi girisaanuuka wansi we n'enkonko giryatika ng'ebisenge by'enjuki mu maiso g'omusyo, ng'amaizi agayiikira awali eibbanga.5Olw'okwonoona kwa Yakobo ebyo byonabyona biribbaawo n'olw'ebibbiibi eby'enyumba ya Isiraeri. Okwonoona okwa Yakobo kiki? ti Samaliya? ebifo ebigulumivu ebya Yuda kiki? si Yerusaalemi?6Kale ndifuula Samaliya ng'ekifunvu mu itale; ng'ebizabbibu ebisimbe; nzeena ndisuula amabbaale gaakyo mu lukonko, era ndyerula emisingi gyakyo. 7Ebifaananyi byakyo byonabyona birisekulwasekulwa n'empeera gyakyo gyonagyona giryokebwa omusyo, nzeena ndizikirirya ebifaananyi byakyo byonabyona; kubanga yagikuŋaanyirye nga giva mu mpeera ey'omukali omwenzi, era giriira eri empeera ey'omwenzi.8Kyendiva mpowoggana, ndikubba ebiwoobe, nditambula nga nyambwire engoye gyange era nga ndi bwereere; ndikunga ng'ebibbe, ndijoonajoona nga bamaaya. 9Kubanga ebiwundu bye tebiwonyezeka; kubanga kituukire no ku Yuda; kituuse ku lwigi olwa wankaaki olw'abantu bange, era ku Yerusaalemi. 10Temukibuulira mu Gaasi, temukunga amaliga n'akatono: ku Besuleyafula neekulukuunyirye mu nfuufu.11Mubite muveeyo, iwe abba mu Safiri, ng'oli bwereere, era ng'okwatibwa ensoni; oyo abba mu Zanani taviiremu; ebiwoobe bya Beswezeeri birikutoolaku ekikondo kyakyo. 12Kubanga oyo abba mu Malosi yeeraliikirira ng'alindirira ebisa; kubanga akabbiibi kaikire, kaviire eri Mukama ku lwigi olwa wankaaki olwa Yerusaalemi.13Siba egaali ku mbalaasi esinga embiro, iwe abba mu Lakisi: oyo ebibi kwe byasookeire eri omuwala wa Sayuuni; kubanga ebyonoono bya Isiraeri byabonekere mu iwe. 14Kyoliva owa ekirabo Molesesu-gaasi, eky'okusebula; enyumba gya Akuzibu giribba eky'obubbeyi eri bakabaka ba Isiraeri.15Nkaali njaba okuleeta gy'oli, iwe abba mu Malesa, oyo aliba wenne iwe; ekitiibwa kya Isiraeri kirituuka era ku Adulamu. 16Weemwe osalire enziiri abaana abakusanyusa; gaziya empaata kyo ng'eikokoma; kubanga bakutoleibweku babire mu kusibibwa.
1Giribasanga abo abateesia obutali butuukirivu, era abakolera obubbiibi ku biriri byabwe! obwire bwe bukva, babukola, kubanga buli mu buyinza bw'emikono gyabwe. 2N'abo abeegomba ebyalo ne babinyaga; era enyumba, ne bagitwala; era bajooga omusaiza n'enyumba ye, era omuntu n'obusika bwe.3Mukama kyava atumula ati nti bona, nteesa akabbiibi ku kika kino, ke mutalitoolamu ikoti lyanyu, so temulitambulya malala; kubanga bino niibyo ebiseera ebibbiibi. 4Ku lunaku ludi balibagerera olugero, era balikubba ebiwoobe ebirimu obwinike obungi, era balitumula nti Tunyagiibwe dala; awaanyisia omugabo ogw'abantu bange; ng'akintoolaku! agabira abajeemu ebyalo byaisu. 5Kyoliva oleka okubba n'omuntu alisuula omuguwa, akalulu bwe kamugwaku, mu ikuŋaaniro lya Mukama.6Temulagulanga, batyo bwe balagula. Tebaliragulira abo; ebivumi tebiritoolebwawo; 7kiritumulwa, iwe enyumba ya Yakobo, nti Omwoyo gwa Mukama gufundire? bino niibyo ebikolwa bye? Ebigambo byange tebiwoomera oyo atambula n'obugolokofu? 8Naye mu naku gino abantu bange bayimukire ng'abalabe; mutoolaku eisuuka ku ngoye gy'abo ababita nga babulaku kye batya, ng'abantu abatataka kulwana.9Abakali ab'abantu bange mubabbinga mu nyumba gyabwe egibasanyusia; ku baana baabwe abatobato mubatoolaku ekitiibwa kyange emirembe gyonagyona. 10Muyimuke, mwabe; kubanga wano ti kiwummulo kyangu; olw'empitambiibi ezikirirya, era n'okuzikirizya okutenkanika. 11Omuntu atambula n'omwoyo ogw'okubbaya, bw'abbeya ng'atumula nti Ndikulagulira eby'omwenge n'ebitamiirya, iye alibba omulaguli ow'abantu bano.12Tindirema kukuŋaanya ab'ewanyu bonabona, iwe Yakobo; tindirema kuleeta aba Isiraeri abalisigalawo; ndibateeka awamu ng'entama egya Bozula; ng'ekisibo ekiri wakati w'eirisiryo lyagyo, baliyoogaana inu kubanga abantu bangi. 13Oyo awagula ayambukire mu maiso gaabwe; bawagwire babitire batuukire ku lwigi olwa wankaaki, era bafulumiire omwo; era kabaka waabwe abitire mu maiso gaabwe, Mukama abatangiire.
1Ne ntumula nti Muwulire, mbeegayirire, imwe abakulu ba Yakobo, naimwe abafuga enyumba ya Isiraeri; ti kwanyu okumanya omusango? 2abakyawa ebisa, era abaagala ebibbiibi; ababatoolaku ekiwu kyabwe n'omubiri gwabwe ku magumba gaabwe; 3era abalya omubiri gw'abantu bange; ne bababbaagaku ekiwu kyabwe n'amagumba gaabwe bagamenya; niiwo awo, babatiimatiima ng'ebyaba mu kibya, era ng'enyama ey'omu ntamu.4Mu biseera ebyo bakungiranga Mukama, so tebairengamu; niiwo awo, yabagisanga amaiso ge mu kiseera ekyo, nga bwe baakola okubbiibi mu bikolwa byabwe.5Ati bw'atumula Mukama ku banabbi abakyamya abantu bange; abaluma n'amainu gaabwe, era batumulira waigulu nti Mirembe; na buli agaana okuwa mu minwa bwabwe, n'okukuma bamukumira olutalo; nti 6Kyekiriva kibba obwire gye muli, muleke okwolesebwa; era endikirirya eribba gye muli, muleke okulagula; era eisana erigwira banabbi, era obwire bulirugala ku ibo. 7N'ababoni balikwatibwa ensoni, n'abalaguli baliswala; niiwo awo, bona balibiika ku mimwa gyabwe; kubanga Wabula kwiramu kwa Katonda.8Naye mazima nze ngizwire amaani olw'omwoyo gwa Mukama, n'omusango n'obuzira, nkobere Yakobo okwonoona kwe era nkobere Isiraeri ebibbiibi bye:9Muwulire kino, mbeegayirira, imwe abakulu b'ennyumba ya Yakobo, naimwe abafuga enyumba ya Isiraeri, abatamwa omusango, era abalya ensonga gyonagyona. 10Bazimba Sayuuni n'omusaayi, era Yerusaalemi bakizimba n'obukyamu. 11Abakulu baakyo basala omusango, baweebwe empeera, na bakabona baakyo bayigiriza bafune ebintu, na banabbi baakyo balagula baweebwe efeeza; naye ibo balyesigama ku Mukama nga batumula nti Mukama tali wakati waisu? akabbiibi tekalitutuukaku.12Sayuuni kyeruliva lulimibwa ng'omutala ku bwanyu, ne Yerusaalemi kirifuuka ekifunvu, n'olusozi olw'enyumba ng'ebifo ebigulumivu eby'omu kibira.
1Naye mu naku eg'oluvanyuma olulituuka olusozi olw'enyumba ya Mukama lulibba lunywevu ku ntiiko y'ensozi era luliyimusibwa okusinga obusozi; era amawanga galikulukutiramu.2Era amawanga mangi agalyaaba, ne gatumula nti Mwize twambuke eri olusozi lwa Mukama, n'eri enyumba ya Katonda wa Yakobo; yeena alitwegeresya eby'enguudo gye, feena tulitambulira mu mangira ge; kubanga mu Sayuuni niimwo muliva amateeka n'ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi. 3Naye alisalira omusango amawanga mangi, era alinenya amawanga ag'amaani agali ewala; era baliweesia ebitala byabwe okuba embago n'amasimu gaabwe okubba ebiwabyo; eigwanga teririyimusia ekitala ku igwanga, so tebaayegenga kulwana ate.4Naye balityama buli muntu mu muizabbibu lye no mu mutiini gwe; so tewalibbaawo abakanga; kubanga omunwa gwa Mukama w'eigye niigwo gutumwire. 5Kubanga amawanga gonagona gatambuliranga buli muntu mu liina lya katonda we, naife twatambuliranga mu liina lya Mukama Katonda waisu emirembe n'emirembe.6Ku lunaku ludi, bw'atumula Mukama, ndikuŋaanya omukali awenyera, era ndireeta oyo abbingibwa n'oyo gwe naboneserye enaku; 7era ndifuula oyo eyawenyeire ekitundu ekyasigairewo n'oyo eyasuuliibwe ewala ndimufuula eigwanga ery'amaani; era Mukama yabafugiranga ku lusozi Sayuuni, okusooka atyanu era n'emirembe gyonagyona, 8Era weena, niiwe ekigo eky'ekisibo, akasozi ak'omuwala wa Sayuuni, kulituuka gy'oli; niiwo awo; okufuga okw'eira kuliira, obwakabaka obw'omuwala wa Yerusaalemi.9Lwaki okukunga einu? wabula kabaka gy'oli, omuteesya wo agota? obubalagazi ne bukukwata nga omukali alumwa okuzaala. 10Lumibwa, sindika, iwe omuwala wa Sayuuni, nga omukali alumwa okuzaala; kubanga atyanu oliva mu kibuga, olisiisira ku itale, era olituuka e Babulooni; eyo gy'orokokera; eyo Mukama gy'alinunulira mu mukono gw'abalabe bo.11Ne atyanu amawanga mangi agakuŋaana okulwana naiwe, gatumula nti Ayonooneke, era amaaio afe galingirira ebyo bye gataka ga bitukire ku Sayuuni. 12Naye tebamaite birowoozo bya Mukama; so tebategeera kuteesia kwe; kubanga bakuŋaanyirye ng'ebiyemba by'eitaani ku iguuliro lye.13Yimuka, okonje, iwe omuwala wa Sayuuni; kubanga ndifuula eiziga lyo ekyuma, era ndifuula ebinuulo byo ebikomo; weena olimenyaameya amawanga mangi; era oliwonga amagoba gaabwe eri Mukama, n'ebintu byabwe eri Mukama w'ensi gonagyona.
1Kaakano wekuŋaanya bibiina bibiina, iwe omuwala w'ebibiina; atuzingizirye ife; balikubba luyi omulamuzi wa Isiraeri n'omwigo.2Naye iwe Besirekemu Efulasa, iwe omutomuto okubba mu nkumi gya Yuda, mu iwe niimwo muliva gye ndi alibba omufugi mu Isiraeri; okutambulatambula kwe kwe ira na ira, emirembe nga gikaali bbaawo. 3Kyaliva abawaayo okutuukya ku biseera alumwa okuzaala lw'alizaala: kale bagande be abasigairewo baliirawo eri abaana ba Isiraeri.4Naye alyemerera aliriisya ekisibo kye mu maani ga Mukama, mu bukulu obw'eriina lya Mukama Katonda we; era balibbeerera awo; kubanga mu naku egyo yabbanga mukulu okutuukya ku nkomerero gy’ensi. 5Era omuntu oyo alibba mirembe gyaisu; Omwasuli bw'aliyingira mu nsi y'ewaisu, bw'alitanbula mu mayumba gaisu, kale tulimuyimusiryaku abasumba musanvu, n’abantu munaana ab'ekitiibwa.6Boona balyonoona ensi ya Asuli n’ekitala era ensi ya Nimuloodi baligyonoona bwe balibba nga bayingiramu; naye alitulokola eri Omwasuli bw'alituuka mu nsi y'ewaisu era bw'alitambula mu nsalo gy'ewaisu. 7Era ekitundu kya Yakobo ekirisigalawo kiribba wakati mu bantu abangi ng'omusulo oguva eri Mukama, nga okufunyagala ku mwido; egitalindirira muntu so n'abaana b'abantu tebagirwisyawo.8Era aba Yakobo abalisigalawo balibba mu mawanga, wakati w'abantu abangi, ng'empologoma mu nsolo egy'omu kibira, ng'empologoma entonto mu bisibo by'entama; bw'ebibitamu, erinyirira era etaagulataagula so wabula mulokozi. 9Omukono gwo guyimuke ku balabe bo; n'abakukyawa bonabona bazikirire.10Era kiribba ku lunaku ludi, bw'atumula Mukama, ndikutoolamu wakati embalaasi gyo; era ndizikirirya amagaali go; 11era ndizikirirya ebibuga eby'omu nsi y'ewanyu, ndisuula wansi ebigo byo byonabyona;12era nditoolamu obulogo mu mukono gwo; so tolibba na baganga ate; 13era ndikutoolamu wakati ebifaananyi byo ebyole n'empagi gyo; so tolisinza ate emirimu egy'engalo gyo. 14Era ndisimbula Baasera bo wakati wo; era ndizikirirya ebibuga byo. 15Era ndiwalana eigwanga n'obusungu n'ekiruyi ku mawanga agatawulira.
1Kale muwulire ebyo Mukama by'atumula; nti Yimuka, tongana mu maiso g'ensozi; obusozi buwulire eidoboozi lyo. 2Muwulire, imwe ensozi, enyombo gya Mukama, era imwe emisingi egy'ensi egy'oluberera: kubanga Mukama alina enyombo n'abantu be, aliwozia ne Isiraeri.3Imwe abantu bange, mbakolere ki? nabbaire mbakoowerye naki? munumirirye. 4Kubanga nakutoire mu nsi y'e Misiri ne nkununula mu nyumba ey'obwidu; ne nkukutangirya Musa no Alooni no Miryamu. 5Mmwe abantu bange, mwijukire no Balaki kabaka wa Mowaabu bye yateeserye, era Balamu omwana wa Byoli bye yamwiriremu; mwijukire ebyabairewo okuva e Sitimu okutuuka e Girugaali, kaisi mumanye ebikolwa eby'obutuukirivu ebya Mukama.6Naizire naki eri Mukama ne nvuunama mu maiso ga Katonda asinga byonabyona? musemberere n'ebiweebwayo ebyokyebwa, n'enyana egyakamala omwaka gumu? 7Mukama alisiima entama enume enkumi oba emiiga egy'amafuta emitwalo? mpeeyo omwana wange omuberyeberye olw'okwonoona kwange, mpeeyo ekibala ky'omubiri gwange olw'ebibbiibi eky'omu meeme yange? 8Akukobeire, iwe omuntu, ekisa bwe kiri; era Mukama akusalira kiki, wabula okukola eby'ensonga, era okutaka ekisa, era okutambula n'obuwombeefu no Katonda wo?9Eidoboozi lya Mukama litumulira waigulu eri ekibuga, n'ow'amagezi alibona eriina lyo; muwulire omwigo, n'oyo bw'ali agulagiire. 10Ebintu eby'omuwendo eby'obubbiibi bikaali mu nyumba y'omubbiibi, n'ekigera ekitatuuka eky'omuzizo?11Ndibba mulongoofu bwe mba ne minzaani ey'obubbiibi n'ensawo erimu ebipima eby'obubbeyi? 12Kubanga abagaiga baakyo baizwire ekyeju, n'abo ababba mu ikyo batumwire eby'obubbeyi, n'olulimi lwabwe lwo bubbeyi mu munwa gwabwe:13Nzeena kyenviire nkusumita ekiwundu ekinene; nkuzikirye olw'ebibbiibi byo. 14Olirya, so toliikuta; era okutoowazibwa kwo kulibba wakati wo; era oliijulula, naye tolitwala mirembe; era ky'otwala ndikiwaayo eri ekitala. 15Olisiga, naye tolikungula; olininirira zeyituuni, naye tolisaaba mafuta; era olisogola, naye tolinywa ku mwenge.16Kubanga ebyalagiirwe Omuli bikuumibwa, era ebikolwa byonabyona eby'omu nyumba ya Akabu; naimwe mutambulira mu kuteesia kwabwe; kaisi nkufule ekifulukwa, n'abo ababba mu ikyo eky'okuduulirwa; naimwe mulitwala ebivume by'abantu bange.
1Ginsangire! kubanga nfaanana nga lwe bamala okulonda emere yonayona ensa, ng'eizabbibu ereerebwa mu lusuku; tewakaali waliwo kiyemba eky'okulya; emeeme yange yeegomba eitiini erisooka okwenga. 2Omwegendereza agotere mu nsi, so wabula mugolokofu mu bantu: bonabona bateega okuyiwa omusaayi, beega buli muntu mugande we n'ekitimba.3Engalo gyabwe gikwata ku by'obubbiibi okunyiikira okubikola; omulangira asaba, omulamuzi ataka okuweebwa empeera; n'omukulu atumula ekibbiibi ekibba mu meeme ye: batyo bwe babirukira awamu. 4Oyo ku abo asinga obusa afaanana ng'omweramanyo, omugolokofu ku abo asinga obubbiibi olukomera lw'amawa: olunaku olw'abakuumi bo, niilwo lw'okubonebwaku, lutuukire: atyanu niiwo wabba okweraliikirira kwabwe.5Temwesiga wo mukwanu, temulowoozanga mukulembeze nga mwesigwa; kuuma enjigi gy'omunwa gwo eri oyo agalamira mu kifubba kyo. 6Kubanga omwana tateekamu kitiibwa itaaye, omuwala akikinalira ku maye, muko mwana ku nazaala we; ab'omu nyumba niibo babba abalabe b'omuntu.7Naye ku bwange nalingiriranga Mukama; naalindiriranga Katonda ow'obulokozi bwange; Katonda wange yampuliranga. 8Tonsanyukiraku, omulabe wange; bwe ngwa, naayimuka; bwe ntyama mu ndikirirya, Mukama yabba musana gye ndi.9Naagumiinkirizianga obusungu bwa Mukama kubanga mujeemeire; okutuusia lw'aliwoza ensonga yange, era lw'alinsalira omusango: alindeeta eri omusana, era ndibona ku butuukirivu bwe.10Kale omulabe wange alikibona, alikwatibwa ensoni; eyakobere nti Mukama Katonda wo aliwaina? Amaiso gange galimubonaku; atyanu aliniinirirwa ng'ebitosi eby'omu nguudo.11Olunaku olw'okuzimba ebisenge byo! ku lunaku ludi ekiragiro kiritwalibwa ewala. 12Ku lunaku ludi baliva mu Bwasuli no mu bibuga bya Misiri balituuka gy'oli, era baliva mu Misiri okutuuka no ku Mwiga, n'okuva ku nyanza okutuuka ku nyanza, n'okuva ku lusozi okutuuka ku lusozi. 13Naye ensi eribba kifulukwa, ku lw'abo ababba omwo, olw'ebibala eby'ebikolwa byabwe.14Liisa abantu bo n'omwigo gwo, ekisibo eky'obutaka bwo, ababba bonka, mu kibira wakati wa Kalumeeri: baliire mu Basani no mu Gireyaadi nga mu naku egyeira. 15Nga bwe nakolere mu naku bwe waviire mu nsi ye Misiri, ndimwolesya eby'ekitalo.16Amawanga galibona, galikwatirwa ensoni amaani gaabwe gonagona; baliteeka engalo gyabwe ku munwa gwabwe, amatu gaabwe galiziba. 17Balikomba ku nfuufu ng'omusota; ng'ebyekulula eby'ensi baliva nga batengera mu bwegisiro bwabwe: baliiza eri Mukama Katonda waisu nga batekemuka era balitya ku lulwo.18Yani Katonda nga iwe asonyiwa obubbiibi, abita ku kwonoona okw'abasigalawo ab'obutaka bwe? talemera mu busungu bwe emirembe gyonagyona kubanga asanyukira okusaasira.19Alikyuka alitusaasira; alisamba okwonoona kwaisu n'ekigere; era olisuula ebibbiibi byabwe byonabyona mu buliba bw'ennyanja. 20Olikolera Yakobo amazima, olikolera Ibulayimu ekisa, bye walayiriire bazeiza baisu okuva mu naku egy'eira.
1Omugugu gwa Nineeve. Ekitabo eky'okwolesebwa kwa Nakumu, Omwerukoosi.2Mukama niiye Katonda w'eiyali, era awalana eigwanga; Mukama awalana eigwanga, era ow'obusungu obungi; Mukama awalana eigwanga abamukyawa, era agisira abalabe be obusungu. 3Mukama tatera kusunguwala, alina amaani mangi, so talitaatira n'akatono. Engira lya Mukama ebiita mu kikuŋunta no mu kibuyaga, era ebireri niingyo enfuufu gy'ebigere bye.4Akangavula enyanza n'agikalya; era akalya emiiga gyonagyona; Basani ebabukire no Kalumeeri, era ekimuli eky'oku Lebanooni kibabukire. 5Ensozi gikankana gyabbaire, busozi ne busaanuuka; era eitakali ne liimuka mu maiso ge; niiwo awo, ensi gyonagyona ne bonabona abagibbamu.6Mu maiso g'obusungu bwe yani asobola okwemerera? yani asobola okubbawo obusungu bwe nga bunyiikiire? obulalu bwe bufukibwa ng'omusyo, n'enjazi zimenyebwamenyebwa niiye.7Mukama musa, kigo ku lunaku olw'okuboneramu enaku; era amaite abo abamwesiga. 8Naye no mukoka akulukuta alimalirawo dala ekifo kyakyo, era abalabe be alibasengererya mu kizikiza.9Kye muteesya ku Mukama kiki? alimalirawo dala; obunaku tebuliyimuka omulundi ogw'okubiri. 10Kubanga waire nga bali ng'amawa agakwatagaine, era nga batobere okwekankana mu kunywa kwabwe, balyokerwa dala ng'ensambu enkalu. 11Mu iwe mwire omumu alowooza akabi ku Mukama, ateesa ebibbiibi.12Ati bw'atumula Mukama nti waire nga balina amaani amakakafu era bangi, era balizikirira, naye alivaawo. waire nga nakubonekerye enaku, tinakubonekyenga naku. 13Era atyanu naamenya ekikoligo kye kive ku iwe, era naakutulakutula ebikusiba.14No Mukama alagiire ku iwe baleke okweyongera okusiga ku liina lyo; ndizikirirya ekifaananyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse bive mu nyumba ya bakatonda bo; ndisima entaana yo; kubanga oli mugwagwa.15Bona, ku nsozi ebigere by'oyo abuulirira ebigambo ebisa, alangira emirembe! Weekuuma embaga gyo, iwe Yuda, tuukirirya obweyamu bwo; kubanga omubbiibi takaali abitanga wakati wo; azikirira dala.
1Oyo atandagira ayambukire mu maiso go; kuuma ekigo, lingirira engira, nyweza enkende yo, bba n'amaani agatasingika. 2Kubanga Mukama airyaawo ekitiibwa ekingi ekya Yakobo, ng'ekitiibwa ekingi ekya Isiraeri; kubanga abaitululi babaitulwire ne baaya amatabi g'emizabbibu gyabwe.3Engaizo gy'abazira niibo be gisiigibwaku gerenge; abantu ab'amaani bavaire engoye entwakaali; ebyoma by'amagaali bimasamasa ku lunaku lw'ateekateeka, era amasumu gagalulwa n'entiisia. 4Amagaali gatayira mu nguudo mbiro, ganyigana mu nguudo engaizi; gafaanana ng'engada, gabuukabuuka ng'emyansa.5Aijukira ab'ekitiibwa ababe; beesitala nga baaba; banguwa okutuuka ku bugwe ow'ekigo, ogugabo ne guteekebwateekebwa.6Enjigi egy'oku miiga gigwirwewo, enyumba ya kabaka ne bagisaanyaawo. 7Kuzabu n'avumbuka, n'atwalibwa, abazaana be ne bakunga nga n'eidoboozi ly'amayeba nga bakubba mu bifubba byabwe.8Naye Nineeve kibairewo okuva mu naku egy'eira ng'ekidiba ky'amaizi; naye bairuka; Mwemerere, mwemerere, bwe bakoowoola; naye wabula alingirira enyuma. 9Munyage efeeza, munyage ezaabu; ebigisiibwe binulaku we bikoma, omuwendo ogw'ebintu byonabyona ebyegombebwa. 10Kiri busa, kiri bwereere, kizikire: wabula aguma omwoyo, amakumbo gakubbagana, okulumizibwa kuli mu nkende gyonagyona, era abantu bonabona batukulatukula mu maiso olw'entiisa.11Empuku y'empologoma eri waina, n'eidiiro ly'empologoma entonto, empologoma ensaiza n'enduusi we gyatambuliranga, omwana gw'empologoma, so wabula agitiisya? 12Empologoma yataagwiretaagwire eky'okumala abaana baayo, n'etugira empologoma gyayo enduusi, n'eizulya empuku gyayo omuyiigo n'ebigonero byayo ebitaagulwa.13Bona, ndi mulabe wo, bw'atumula Mukama w'eigye; nzeena ndyokya amagaali gaakyo mu mwoka, n'ekitala kirizikirirya empologoma gyakyo entonto; era nditoola ku nsi ky'otaagula, n'eidoboozi ly'ababaka bo terywulirwenga ate.
1Gikisangire ekibuga eky'omusaayi! kyonakyona kizwire eby'obubbeyi n'eby'amaani; ekitaagulwataagulwa tekivaamu. 2Okuvuuma kw'olukoba n'okuvuuma kwe mpanka egiyiringita; n'embalaasi nga ginyirira n'amagaali nga gabuukabuuka;3n'abo abeebagala nga baniina n'okumasamasa kw'ekitala n'okumyansa kw'amasimu; era abafu bangi n'emirambo entuumu nene; so n'emirambo gibulaku we gikoma; beesitala ku mirambo gyabwe. 4Kubanga okwenda kw'omwenzi omusa kungi inu kimu, omukulu w'obulogo, atunda amawanga n'eby'obwenzi bye, era enda n'obulogo bwe.5Bona, ndi mulabe wo bw'atumula Mukama w'eigye; nzeena ndibikula ebirenge byo ku maiso go; nanze ndibonesya amawanga obwereere bwo, n'obwakabaka ndibubonesya ensoni gyo. 6Era ndikusuulira ebyenyinyalwa, era ndikutoolaku ekitiibwa, era ndikuteekawo okubba ekiringirirwa. 7Awo olulituuka bonabona abalikulingirira balikwiruka ne batumula nti Nineeve kyonoonekere; yani eyakikubbira ebiwoobe? ndisagigirira waina abo abalikukubbagizya?8Osinga Nowamoni obusa, ekyakubiibwe awali emiiga, ekyabbaire amaizi amangi enjuyi gyonagyona; era olukomera lwakyo nyanza: n'enyanza yabbaire bugwe waakyo? 9Obwesiyopya ne Misiri maani gaakyo so tegasingika; aba Puti n'Abalubi niibo babbaire ababeezi bo.10Naye kyatwaliibwe, kyayabire mu bwidu; n'abaana baakyo abatobato baatandagirwa ku masaŋangira g'enguudo gyonagyona n'ab'ekitiibwa baabakubbiraku akalulu, n'abakulu be bonabona baasibibwa mu njegere. 11Era weena olitamiira, oligisibwa; era weena olisagira ekigo ku lw'abalabe.12Ebigo byo byonabyona biribba nge mitiini egibbaaku eitiini egisooka okwenga: bwe gikunkumuka, gigwa mu munwa gw'omuli. 13Bona, abantu bo wakati wo bakali; enjigi egya wankaaki egy'ensi yo giigulirwa dala eri abalabe bo; omuliro ne gulya emikiikiro gyo.14Weesenere amaizi olw'okuzingizibwa, nywezya ebigo byo, niina ku itakali, samba eibbumba, nywezya ekyokero ky'amatafaali. 15Omusyo gulikwokyerya eyo; ekitala kirikuzikirirya, kirikulya nga kalusejera; weeyalire nga kalusejera, weeyalire ng'enzige.16Wayalirye abasuubuzi bo okusinga emunyeenye egy'omu igulu obungi; kalusejera koonoona ne kabuuka ne kaaba. 17Ababo abatikiibwe engule babbaire ng'enzige; abagabe bo ng'ebifuko by'amayanzi agabeera mu bisagazi ku lunaku lw'empewo, naye enjuba bw'evaayo zidduka, n'ekifo we zibeera tekimanyibwa.18Abasumba bo babongoota, ggwe kabaka w'e Bwasuli; abakulu bo ab'ekitiibwa bawummula; abantu bo basaasaanira ku nsozi, so tewali wa kubakuŋŋaanya. 19Tewali kya kukkakkanya bulumi bwo; ekiwundu kyo kinene; bonna abawulira ebigambo byo
1Omugugu Kaabakuuku nabbi gwe yaboine. 2Ai Mukama, ndituukya waina okukunga, naiwe nga toikirirya kuwulira? Nkukungirira olw'eby'ekyeju so toikirirya kulokola.3Onjoleserye ki obutali butuukirivu n'olingirira obukyamu? kubanga okunyaga n'ekyeju biri mu maiso gange: era waliwo empaka, n'okutongana kubbaawo. 4Amateeka kye gaviire gairirira, so n'omusango tegufulumanga n'akatono; kubanga omubbiibi azingizirye omutuukirivu omusango kyeviire gufuluma nga gunyooleibwe.5Mulabe mu mawanga, museeyo omwoyo, mwewuunye inu kimu: kubanga nkolera omulimu mu naku gyanyu, gwe mutalikirirya waire nga mugukobeirwe. 6Kubanga, bona, ngolokosya Abakaludaaya, eigwanga eryo eikakali eryanguyirirya; abasimba enyiriri okutambula okubunya ensi bwe yekankana obugazi, okulya enyumba egitali gyabwe. 7Be ntiisa, be kitiibwa: omusango gwabwe n'obukulu bwabwe biva eri bo beene.8Era embalaasi gyabwe gisinga engo embiro, era ndalu okusinga emisege egy'obwire; n'abasaiza baabwe abeebagala embalaasi bagoma: niiwo awo, abasaiza baabwe abeebagala embalaasi bava wala; babuuka ng'eikokooma elyanguwa okulya. 9Baiza lwe kyeju bonabona; bavulumula amaiso gaabwe ng'embuyaga ez'ebuvaisana; era bakuŋaanya abasibe ng'omusenyu.10Weewaawo, asekerera bakabaka, n'abakungu baba ba kuduulirwa gy'ali: aduulira buli kigo; kubanga atuuma enfuufu n'akimenya. 11Awo aliyita ng'awulukuka ng'embuyaga, era alisukkirira n'azza omusango: ye amaanyi ge gabeera katonda we.12Ggwe toli wa mirembe n'emirembe, ai Mukama Katonda wange, Omutukuvu wange? tetulifa. Ai Mukama, wamuteekerawo musango; naawe, ai Olwazi, wamunywereza kubuulirira.13Ggwe alina amaaso agayinze obulongoofu obutatunuulira bubi, so toyinza kulaba bukyamu, lwaki ggwe okutunuulira abo abakuusakuusa, n'osirika omubi bw'aliira ddala omuntu amusinga obutuukirivu; 14n'ofuula abantu ng'ebyennyanja era ng'ebintu ebyewalula ebitaliiko abifuga?15Abakwata bonna n'eddobo, abatega mu muya gwe, era abakuŋŋaanyiza mu kiragala kye: kyava asanyuka n'ajaguza. 16Kyava awaayo ssaddaaka eri omuya gwe, n'ayotereza ekiragala kye obubaane; kubanga olw'ebyo omugabo gwe kyeguva guba ogwa ssava, emmere ye n'eba nnyingi. 17Kale kyaliva afuka omuya gwe, n'atalekaayo kutta amawanga olutata?
1Ndyemerera we nkuumira ne neeteeka ku kigo, ne nengera okubona byeyatumula nanze, era bye mba ngiramu eby'okwemulugunya kwange.2Awo Mukama n'angiramu n'atumula nti Wandiika okwolesebwa okwo, okwole kusa ku bipande, akusoma airuke mbiro. 3Kubanga okwolesebwa okwo kukaali kwe ntuuko gyakwo egyalagiirwe, era kwanguwa okutuusya enkomerero, so tekulibbeya: waire nga kulwawo, kulindirirenga; kubanga tekulirema kwiza, tekulirwawo.4Bona, emeeme ye yeegulumizirye, ti ngolokofu mu iye: naye omutuukirivu aliba mulamu lwo kwikirirya kwe. 5Weewaawo, era omwenge mulyazaamaanyi, musaiza wa malala, era atatyama waika; agaziya okwegomba kwe ng'amagombe, era ali ng'okufa, so tasobola kwikuta, naye n'akuŋaanyiya gy'ali amawanga gonagona, ne yeetuumira ebika byonabyona.6Abo bonabona tebalimugereraku lugero ne bamukokoleraku ekikooko ne batumula nti Gimusangire oyo ayalya ebyo ebitali bibye! alituusya waina? era eyeebbinika emisingo! 7Tebaliyimuka nga tomanyiriire abo abalikuluma, tebalizuuka abalikweraliikirirya, naiwe n'obba munyale gye bali? 8Kubanga wanyagire amawanga mangi, ekitundu kyonakyona ekifiikirewo ku mawanga balikunyaga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'ekyeju ekyagiriirwe ensi n'ekibuga ne bonabona abakibbamu.9Gimusangire oyo afunira enyumba ye amagoba amabbiibi, azimbe ekisu kye waigulu, awonyezebwe mu mukono gw'obubbiibi! 10Oteesereirye enyumba yo ensoni, ng'omalawo amawanga mangi, era wasoberye emeeme yo iwe. 11Kubanga eibbaale liryogerera waigulu nga liyima mu kisenge, n'omusaale guliriramu nga guyima mu misekese.12Gimusangire oyo azimba ekibuga n'omusaayi, n'anywezya ekibuga n'obutali butuukirivu! 13Bona, tekyaviire eri Mukama w'eigye abantu okutengejera omusyo, n'amawanga okweyooyeserya obutaliimu? 14Kubanga ensi eriizula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ng'amaizi bwe gasaanikira ku nyanza.15Gimusangire oyo awa mwinaye ebyokunywa, n'oyongeraku n'obutwa bwo, n'okutamiirya n'omutamiirya kaisi olingirire ensoni gyabwe! 16Oizwire ensoni awaabbanga ekitiibwa: weena nywa, obbe ng'atali mukomole: ekikompe eky'omu mukono gwa Mukama omulyo kirikyusibwa eri iwe, n'ensoni egy'obuwemu ziribba ku kitiibwa kyo.17Kubanga ekyeju ekyagiriirwe Lebanooni kirikubiikaku, n'okuzikirira kw'ensolo egyabatiisyanga; olw'omusaayi gw'abantu n'olw'ekyeju ekyagiriirwe ensi n'ekibuga ne bonabona abakityaimemu.18Ekifaananyi ekyole kigasa ki, omukozi waakyo n'okwola n'akyola; ekifaananyi ekisaanuukye n'omwegeresya w'eby'obubbeyi bigasa ki, omukozi w'omulimu gwe n'okwesiga n'akyesiga, okukola esanamu ensiru! 19Gimusangire oyo akoba omusaale nti Zuuka; akoba eibbaale eisiru nti Golokoka! Kino kyayegeresya? Bona, kibiikibweku zaabu ne feeza, so wabula mwoka n'akamu konka wakati mu ikyo. 20Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu: ensi gyonagyona gibunire mu maiso ge.
1Okusaba kwa Kaabakuuku nabbi, okw'Ekisigiyonosi. 2Ai Mukama, mpuliire ebigambo byo, n'entya: Ai Mukama, zuukizia omulimu gwo wakati mu myaka, Gumanyisye wakati mu myaka; Awali obusungu, ijukira okusaasira.3Katonda yaizire ng'ava ku Temani, Era Omutukuvu yaizire ng'ava ku lusozi Palani (Seera) Ekitiibwa kye kyabikire ku igulu, Ensi n'eizula eitendo lye.4N'okumasamasa kwe kwabbaire ng'omusana; Yabbaire n'amaziga nga gava mu mukono gwe: Era omwo niimwo mwabbaire okugisa amaani ge. 5Kawumpuli yatambwire okumutangira, Obusaale obw'omusyo ne bufuluma awali ebigere bye.6Yayemereire n'apima ensi; Yamogere n'abbinga amawanga n'agasalamu: Ensozi egy'olubeerera ne gisaansaana, Obusozi obutawaawo ne bukutama; Okutambula kwe kwabbaire nga bwe kwabanga obw'eira.7Naboine eweema gya Kusani nga giboine enaku: Amagigi g'ensi ya Midiyaani ne gakankana. 8Mukama yanyiigira emiiga? Obusungu bwo bwabaire ku miiga, Oba ekiruyi kyo ku nyanza, N'okwebagala ne weebagala embalaasi zo, N'oniina ku magaali go ag'obulokozi?9Omutego gwo gwasowoleirwe dala; Ebirayiro bye walayiriire ebika byabbaire kigambo kye nkalakalira. (Seera) Ensi wagyasiryemu n'emiiga: 10Ensozi gyakuboine ne gitya; Amataba ag'amaizi ne gabitawo: Enyanza yaleetere eidoboozi lyayo, N'eyimusa emikono gyayo waigulu.11Eisana n'omwezi ne byemerera mu kifo kyabyo mwe bibba; Olw'okutangaala kw'obusaale bwo nga butambula, Olw'okwakaayakana kw'eisimu lyo erimasamasa. 12Watambwire okubita mu nsi ng'oliku ekiruyi, N'owuula amawanga ng'oliku obusungu.13Wafulumire okuleetera abantu bo obulokozi, Okuleetera obulokozi oyo gwe wafukireku amafuta; Wafumitire omutwe ogw'omu nyumba y'omubbiibi, Ng'oyerula omusingi okutuuka no ku nsingo. (Seera)14Wafumitire n'emiguma gye iye omutwe gw'abalwani be: Baiza ng'embuyaga egy'akampusi okunsaasaanya: Okusanyuka kwabwe kulya omwavu kyama: 15Waniinire Enyanza n'embalaasi gyo, Entuumu ey'amaizi ag'amaani.16Nawuliire, ekida kyange ne kikankana, Emunwa gwange ne gijugumirira eidoboozi eryo; Okuvunda ne kuyingira mu magumba gange, ne nkankanira mu kifo kyange: Mpumulire ku lunaku olw'okuboneramu enaku, Bwe girisanga abantu abamutabaire ebibiina.17Kubanga omutiini waire nga tegwanya, So n'emizabbibu nga gibulaku ebibala; Ne bwe bateganiire omuzeyituuni obwereere, Enimiro ne gitaleeta mere yonayona; Embuli nga gimaliibwewo ku kisibo, So nga wabula nte mu biraalo:18Era naye ndisanyukira Mukama, Ndijaguzirya Katonda ow'obulokozi bwange. 19Yakuwa, Mukama, niigo maani gange, Naye afuula ebigere byange okubba ng'eby'empeewo, Era alintambulirya ku bifo byange ebigulumivu. Yo Mukulu w'Abembi, ku bivuga byange ebirina enkoba.
1Ekigambo kya Mukama ekyaiziire Zefaniya mutaane wa Kuusi, mutaane wa Gedaliya, mutaane wa Amaliya, mutaane wa Kezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutaane wa Amoni, kabaka wa Yuda. 2Ndizikiririrya dala byonabyona okuva ku maiso g'ensi, bw'atumula Mukama. 3Ndimalawo omuntu n'ensolo; ndizikirirya enyonyi egy'omu ibbanga n'ebyenyanza ebiri mu nyanza, n'enkonge wamu n'ababbiibi: era ndimalawo abantu okuva ku maiso g'ensi, bw'atumula Mukama.4Era ndigololera ku Yuda omukono gwange no ku abo bonabona abali mu Yerusaalemi; era ndimalawo ekitundu kya Babbaire ekifiikirewo okuva mu kifo kino, n'eriina lya Bakemali wamu na bakabona; 5n'abo abasinzizirye eigye ery'omu igulu ku nyumba waigulu; n'abo abasinza, abalayiriire Mukama nga balayira Malukamu; 6n'abo abairire enyuma obutasengererya Mukama; n'abo abatasagiranga Mukama waire okumubuulya.7Sirika awali Mukama Katonda: kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi: kubanga Mukama ategekere sadaaka, atukuzirye abageni be. 8Awo olulituuka ku lunaku Mukama kw'aliweerayo sadaaka ndibonereza abakungu n'abaana ba kabaka n'abo bonabona abavaire ebivaalo ebinaigwanga. 9Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonabona ababuuka ku mulyango, abaizulya enyumba ya mukama waabwe ekyeju n'obubbeyi.10Awo ku lunaku ludi, bw'atumula Mukama, walibbaawo eidoboozi ery'okuleekaana eriva ku mulyango ogw'ebyenyanza, n'okuwowogana okuva mu luuyi olw'okubiri, n'okubwatuuka okunene okuva ku nsozi. 11Muwowogane, imwe abali mu Makutesi, kubanga abantu bonabona aba Kanani gibasangire: n'abo abeebbinikanga feeza bazikiriire.12Awo olulituuka mu biseera ebyo nditaganjula Yerusaalemi n'etabaaza; era ndibonereza abasaiza abatesengezerye eibbonda lyabwe, abatumula mu mwoyo gwabwe nti Mukama talikola kusa so talikola kubbiibi. 13N'obugaiga bwabwe bulifuuka munyago, n'ennyumba gyaabwe matongo; niiwo awo, balizimba enyumba naye tebalizituulamu; era balisimba ensuku egy'emizabbibu naye tebalinywa mwenge gwamu.14Olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi, luli kumpi era lwanguwa mangu inu, eidoboozi ery'olunaku lwa Mukama; omusaiza ow'amaani alikungira eyo ng'aliku obwinike bungi. 15Olunaku olwo lunaku lwo busungu, lunaku lwo bwinike n'okubona enaku, lunaku lwa kuziikiraku n'okulekebwawo, lunaku lwe ndikirirya n'ekikome, lunaku lwa bireri n’endikirirya ekwaite, 16lunaku lwe ikondeere n'okulawa, eri ebibuga ebiriku enkomera n'eri ebigo ebigulumivu.17Era ndireeta obuyinike ku bantu, batambule ng'abaduka b'amaiso, kubanga bayonoonere Mukama: n'omusaayi gwabwe gulifukibwa ng'enfuufu, n'omubiri gwabwe ng'obusa. 18Efeeza yaabwe terisobola kubawonyerya ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama waire ezaabu yaabwe; naye ensi yonayona omusyo ogweiyali bwe guligyokya: kubanga alimalawo, niiwo awo, alimalirawo dala n'entiisya abo bonabona abali mu nsi.
1Mukuŋaane, niiwo awo, mukuŋaane, ai eigwanga eribula kukwatibwa nsoni; 2eiteeka nga lukaali kuzaala, olunaku nga lukaali kubita ng'ebisusunku, ekiruyi kya Mukama nga kikaali kubatuukaku, olunaku olw'obusungu bwa Mukama, nga lukaali kubatuukaku. 3Musagire Mukama, imwe mwenamwena abawombeefu ab'omu nsi, abakola emisango gye; musagire obutuukirivu, musagire obuwombeefu: koizi muligisibwa ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama.4Kubanga Gaza kirirekebwawo, ne Asukulooni kiribba matongo: Asudodi balikibbinga mu ituntu, ne Ekuloni kirisimbulibwa. 5gibasangire abo abali ku lubalama lw'enyanza, amawanga ag'Abakeresi! Ekigambo kya Mukama kiboolekeire, ai Kanani, ensi ey'Abafirisuuti; ndikuzikirirya so tewalibba atyama omwo.6N'olubalama lw'enyanza lulibba maliisiryo, nga mulimu ensiisira egy'abasumba n'ebisibo eby'embuli. 7Era olubalama lw'enyanza lulibba lwe kitundu ky'enyumba ya Yuda ekifikirewo; balisiryanga eyo: mu nyumba gya Asukulooni niimwo mwe bagalamiranga akawungeezi; kubanga Mukama Katonda waabwe alibaizira n'airyawo obusibe bwabwe.8Mpuliire okuvuma kwa Mowaabu n'okutongana kw'abaana ba Amoni kwe bavumire abantu bange ne beegulumirizia ku nsalo yaabwe. 9Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama w'eigye, Katonda wa Isiraeri, mazima Mowaabu alibba nga Sodomu, n'abaana ba Amoni nga Gomola, ekifo emyenyango kye gyemala, n'obwina obw'omunyu, n'amatongo agatalivaawo: abantu bange abalibba basigairewo balibanyaga, n'ekitundu ky'eigwanga lyange ekifiikirewo kiribasikira.10Olw'amalala gaabwe kyebaliva babba n'ekyo, kubanga bavumire abantu ba Mukama w'eigye ne babeegulumiziryaku. 11Mukama alibba wa ntiisia gye bali: kubanga aliyondya bakatonda bonabona ab'ensi gyonagyona; kale abantu balimusinza, buli muntu ng'ayima mu kifo kye, ebizinga byonabyona eby'amawanga.12Naimwe Abaesiyopya, mulitibwa n'ekitala kyange. 13Era aligololera omukono gwe ku bukiika obugooda n'azikirirya Obwasuli; n'afuula Nineeve okuba amatongo era ekikalu ng'eidungu. 14Era ente gyagalamiranga wakati mu ikyo, ensolo gyonagyona egy'amawanga: kimbala era ne namunungu bagonanga ku mitwe gy'empagi zaakyo: eidoboozi lyabwe lyayemberanga mu madirisa; okuzikirira kwabbanga mu miryango: kubanga ayerwire enjola egy'emivule.15Kino niikyo kibuga eky'eisanyu ekyegololanga, ekyayogeranga mu mwoyo gwakyo nti Nze ndiwo so wabula gondi wabula nze: nga kifuukire matongo, ekifo ensolo we gigalamira! buli muntu akibitaku yaniosoolanga n'anyeenya omukono gwe.
1Gikisangire ekijeemu ekyo era ekyonoonefu, ekibuga ekijooga! 2Tekyagondeire eidoboozi; tekyaikiriirye kubuulirirwa; tekyesigire Mukama; tekyasembereire Katonda waakyo.3Abakungu baamu wakati mu ikyo mpologoma egiwuluguma; abalamuzi baamu misege gyo bwire; tebafiikiryewo kintu okutuusya amakeeri. 4Banabbi baamu biwowongole, era be nkwe: bakabona baakyo boonoona ekifo ekitukuvu, bakoleire amateeka ekyeju.5Mukama ali wakati mu ikyo mutuukirivu; talikola ebitali byo butuukirivu; buli makeeri ayolesya omusango gwe, talekayo; naye atali mutuukirivu tamaite kukwatibwa nsoni.6Malirewo amawanga, amakomera gaabwe galekeibwewo; njikirye enguudo gyabwe, ne watabba abitawo: ebibuga byabwe bizikiriire, ne watabbaawo muntu so wabula atyamamu. 7Natumula nti Mazima wantya, waikirirya okubuulirirwa; kale enyumba gyakyo tezandimaliibwewo, nga byonabyona bwe biri bye nalagiire ku lwakyo: naye ne bagolokokanga mu makeeri ne boonoona ebikolwa byabwe byonabyona.8Kale munindirire, bw'atumula Mukama, okutuusya ku lunaku lwe ndigolokoka okukwata omuyigo: kubanga maliriire okukuŋaanya amawanga, ndeete obwakabaka okubafukaku okunyiiga kwange, ekiruyi kyange kyonakyona; kubanga ensi gyonagyona omusyo ogw'eiyali lyange guligirya.9Kubanga mu biseera ebyo ndikyusirya amawanga olulimi olulongoofu, bonabona bakungire eriina lya Mukama, okumuweereza n'omwoyo gumu. 10Abo abaneegayirira, niiye muwala w'abange abasaansaanire, balireeta ekitone kyange nga bava emitala w'emiiga egy'Obuwesiyopya. 11Ku lunaku olwo tolikwatibwa nsoni olw'ebikolwa byo byonabyona bye wansoberye kubanga lwe ndiiza wakati mu iwe ababo abeenyumirizya n'amalala, so weena tolibba na kitigi ate ku lusozi lwange olutukuvu.12Naye ndireka wakati mu iwe abantu ababonyaabonyezebwa era abaavu, era balyesiga eriina lya Mukama. 13Ekitundu kya Isiraeri ekirifikkawo tebalikola ebitali byo butuukirivu so tebalitumula eby'obubbeyi so n'olulimi olukuusa teruliboneka mu munwa gwabwe kubanga balirya, baligalamira, so tewalibba alibatiisya.14Yemba, ai omuwala wa Sayuuni; tumulira waigulu, ai Isiraeri; sanyuka ojaguze n'omwoyo gwonagwona, ai omuwala wa Yerusaalemi. 15Mukama atoirewo emisango gyo, abbingire omulabe wo: kabaka wa Isiraeri, Mukama, ali wakati mu iwe: tolitya bubbiibi ate lwo kubiri. 16Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirikobebwa nti Totya; ai Sayuuni, emikono gyo gireke okwiririra.17Mukama Katonda wo ali wakati wo, ow'amaanyi yalokola: alikusanyukira n'eisanyu, aliwumulira mu kutaka kwe, alikusanyukira ng'ayemba. 18Ndikuŋaanya abo abanakuwalira okukuŋaana okutukuvu, ababbaire ababo: omugugu ogwabbaire ku ikyo kyabbaire kivumi gye bali.19Bona, mu biseera ebyo ndibonereza abo bonabona abakubonyaabonya: era ndirokola Omukali awenyera, ne nkuŋaanya oyo eyabbingibwe; era ndibafuula eitendo n'eriina abakwatiirwe ensoni mu nsi gyonagyona. 20Mu biseera ebyo ndibayingirya, no mu biseera ebyo ndibakuŋaanya: kubanga ndibafuula eriina n'eitendo mu mawanga gonagona ag'omu nsi gyonagyona, bwe ndiiryawo obusibe bwange imwe nga mubona, bw'atumula Mukama.
1Mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo kabaka, mu mwezi ogw'omukaaga, ku lunaku olw'omwezi olw'oluberyeberye, ekigambo kya Mukama ne kiizira mu Kagayi nabbi eri Zerubbaberi mutaane wa Seyalutyeri oweisaza lya Yuda n'eri Yosuwa mutaane wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nga kitumula nti 2Ati bw'atumula Mukama w'eigye nti Abantu bano batumula nti Atyanu ti niikyo ekiseera ife okwiza, ekiseera eky'okuzimbiramu enyumba ya Mukama.3Awo ekigambo kya Mukama ne kiizira mu Kagayi nabi nga kitumula nti 4niikyo ekiseera imwe beene okubba mu nyumba gyanyu egibiikiibweku, enyumba eno ng'ebbeerera awo ng'erekeibwewo? 5Kale ati bw'atumula Mukama w'eigye nti Mulowooze amangira ganyu. 6Mwasigire bingi, ne mukungula bitono; mulya naye temwikuta; munywa naye temwikuta bye munywa; muvaala naye wabula asuuwa; n'oyo afuna empeera afuna kugiteeka mu nsawo eyawumukirewumukire.7Ati bw'atumula Mukama w'eigye nti Mulowooze amangira ganyu. 8Muniine ku lusozi, muleete emisaale, muzimbe enyumba; nzeena ndigisanyukira, era ndigulumizibwa, bw'atumula Mukama. 9Mwasuubiire bingi, kale, bona, ne bibba bitono; era bwe mwabireetere eika, ne mbifuumuula. Lwaki? bw'atumula Mukama w'eigye. Ogw'enyumba yange ebeerera awo ng'erekeibwewo, naimwe mwirukira buli muntu eri enyumba ye.10Kale ku lwanyu eigulu kyeriviire liziyizibwa okuleeta omusulo, n'eitakali liziyizibwa okubala ebibala byalyo. 11Ne njeta ekyanda okwiza ku nsi no ku nsozi ne ku ŋaanu ne ku mwenge no ku mafuta no ku ebyo eitakali bye libala no ku bantu no ku nsolo no ku mirimu gyonagyona egy'engalo.12Awo Zerubbaberi mutaane wa Seyalutyeri no Yosuwa mutaane wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu wamu n'abantu bonabona abafiikirewo ne bagondera eidoboozi lya Mukama Katonda waabwe n'ebigambo bya Kagayi nabbi nga Mukama Katonda waabwe bwe yamutumire; abantu ne batya mu maiso ga Mukama. 13Awo Kagayi omubaka wa Mukama n'akoba abantu ng'ayima mu bubaka bwa Mukama nti Nze ndi wamu naimwe, bw'atumula Mukama.14Awo Mukama n'akubbirirya omwoyo gwa Zerubbaberi omutaane wa Seyalutyeri oweisaza lya Yuda n'omwoyo gwa Yosuwa mutaane wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu n'omwoyo gw'abantu bonabona ababbaire bafiikirewo, ne baiza ne bakola omulimu mu nyumba ya Mukama w'eigye Katonda waabwe, 15ku lunaku olw'omwezi olw'abiri mu nya, mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo kabaka.
1Mu mwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'omwezi ogwa abiri no lumu ekigambo kya Mukama ne kiizira mu Kagayi nabbi nga kitumula nti 2koba Zerubbaberi mutaane wa Seyalutyeri oweisaza lya Yuda ne Yosuwa mutaane wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu n'abantu abafiikirewo ng'otumula nti3Yani asigaire mu imwe eyaboine enyumba eno mu kitiibwa kyayo ekyasookere? era mugibona mutya atyanu? temugibona nga ebulamu ko buntu mu maiso ganyu? 4Era naye atyanu bba n'amaani, ai Zerubbaberi, bw'tumula Mukama; era bba n'amaani, ai Yosuwa mutaane wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; era mubbe n'amaani, imwe mwenamwena abantu ab'omu nsi, bw'atumula Mukama, mukole omulimu: kubanga nze ndi wamu naimwe, bw'atumula Mukama w'eigye, 5ng'ekigambo bwe kiri kye nalagaine naimwe bwe mwaviire mu Misiri, omwoyo gwange ne gubba mu imwe: temutya.6Kubanga ati bw'atumula Mukama w'eigye, nti Ekaali esigaireyo omulundi gumu, ekiseera kitono, ngikaikanie eigulu n'ensi n'enyanza n'olukalu; 7ndikaikania amawanga gonagona, n'ebyo ebyegombebwa amawanga gonagona biriiza, era ndiizulya enyumba eno ekitiibwa, bw'atumula Mukama w'eigye:8Efeeza yange ne zaabu yange, bw'atumula Mukama w'eigye. 9Ekitiibwa eky'enyumba eno eky'oluvanyuma kirisinga kiri ekyasookere, bw'atumula Mukama w'eigye: era mu kifo kino mwe ndiwa emirembe, bw'atumula Mukama w'eigye.10Ku lunaku olw'amakumi abiri mu nya olw'omwezi olw'omwenda mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo ekigambo kya Mukama ne kiizira mu Kagayi nabbi nga kitumula nti 11Ati bw'atumula Mukama w'eigye nti Buulya bakabona eby'amateeka ng'otumula nti 12Omuntu bw'asitulira enyama entukuvu mu kirenge eky'ekivaalo kye, n'akoma ku mere n'ekirenge kye oba mugoyo oba mwenge oba mafuta oba mere yonayona, kiriba kitukuvu? Bakabona ne bairamu ne batumula nti Bbe.13Awo Kagayi Kaisi n'atumula nti Omuntu atali mulongoofu olw'omulambo bw'abba ng'akomere ku kimu ku ebyo byonabyona, kiribba ekitali kirongoofu? Bakabona ne bairamu ne batumula nti Kiribba ekitali kirongoofu. 14Awo Kagayi kaisi nairamu n'atumula nti Abantu bano bwe babbaire batyo, era eigwanga lino bwe liri lityo mu maiso gange, bw'atumula Mukama; era na buli mulimu ogw'emikono gyabwe guli gutyo; n'ekyo kye baweerayo eyo ti kirongoofu.15Kale , mbeegayiriire, mulowooze okuva atyanu n’okwira enyuma, eibbaale nga likaali kuteekebwa ku ibbaale mu yeekaalu ya Mukama: 16mu biseera ebyo byonabyona omuntu bwe yaizanga eri entuumu ey'ebipimo amakumi abiri waabbangawo ikumi lyereere: omuntu bwe yaizanga eri eisogolero okusena ebideku ataano, nga mulimu abiri meereere. 17Nabakubba n'okugengewala n'obukuku n'omuzira mu mulimu gwonagwona ogw'emikono gyanyu; era naye temwankyukiire, bw'atumula Mukama.18Mulowooze, mbeegayiriire, okuva atyanu n'okwira enyuma, okuva ku lunaku olw'abiri mu nya olw'omwezi ogw'omwenda, okuva ku lunaku lwe baasimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama, mukirowooze. 19Ensigo gikaali mu igwanika? niiwo awo, omuzabbibu n'omutiini n'omukomamawanga n'omuzeyituuni gikaali kubala; okuva ku lunaku lwa atyanu ndibawa omukisa.20Awo ekigambo kya Mukama ne kiizira Kagayi omulundi ogw'okubiri ku lunaku olw'abiri mu nya olw'omwezi nga kitumula nti 21Tumula no Zerubbaberi oweisaza lya Yuda ng'otumula nti Ndisisiikya eigulu n'ensi; 22era ndisuula entebe ey'obwakabaka bungi, era ndizikirirya amaani ag'obwakabaka obw'amawanga; era ndisuula amagaali n'abo abagatambuliramu; n'embalaasi n'abo abagyebagala baliikaikanyizibwa buli muntu n'ekitala kya mugande we.2323 Ku lunaku olwo, bw'atumula Mukama w'eigye, ndikutwala iwe, ai Zerubbaberi omwidu wange, mutaane wa Seyalutyeri, bw'atumula Mukama, ne nkufuula ng'akabonero; kubanga nkulondere, bw'atumula Mukama w'eigye.
1Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama eri Isiraeri ekyaiziire mu Malaki. 2Nabatakire, bw'atumula Mukama. Era naye mutumula nti Watutakire otya? Esawu teyabbaire mugande wa Yakobo? bw'atumula Mukama: era yeena namutakire Yakobo; 3naye Esawu n'amukyawire, ne nfuula ensozi gye okubba amatongo, ne mpa obusika bwe ebibbe eby'omu idungu.4Kubanga Edomu atumula nti Tukubbiibwe wansi, naye tuliira ne tuzimba ebifo ebyazikire; ati bw'atumula Mukama w'eigye nti Ibo balizimba, naye nze ndyabya: era abantu babeetanga nti Nsalo yo bubbiibi, era nti Bantu Mukama b'anyiigira enaku gyonagyona. 5Era amaiso ganyu galibona, ne mutumula nti Mukama agulumizibwe okusuka ensalo ya Isiraeri.6Omwana ateekamu ekitiibwa itaaye, n'omwidu mukama we: kale oba nga ndi itawanyu, ekitiibwa kyange kiri waina? era oba nga ndi mukama Itwanyu okutiibwa kwange kuli waina? Mukama w'eigye bw'akoba imwe, Ai bakabona abanyooma eriina lyange. Era mutumula nti Twabbaire tunyoomere tutya eriina lyo? 7Muweerayo ku kyoto kyange omugaati ogwonoonekere. Era mutumula nti Twakwonoonere tutya? Kubanga mutumula nti Emeeza ya Mukama ebulamu ko buntu.8Era bwe muwaayo enduka y'amaaso okubba saddaaka, nga ti bubbiibi! era bwe muwaayo ewenyera n'endwaire, nga ti bubbiibi! Kale gitonere oyo akutwala; yakusanyukira? oba yaikirirya amaiso go? bw'atumula Mukama w'eigye. 9Kale mbeegayirire musabe ekisa kya Katonda, atukwatirwe ekisa: ebyo byabbairewo ku bwanyu: waliwo ku imwe gw'eyaikiriryaku amaiso ge? bw'atumula Mukama w’eigye.10Mu imwe singa mubairemu n'omu eyandigairewo enjigi, muleke okukuma omusyo ku kyoto kyange obwereere! Timbasanyukira n'akatono, bw'atumula Mukama w'eigye, so tinjikirirye kiweebwayo eri omukono gwanyu. 11Kubanga okuva eisana gy'eva okutuusia gy'erigwa eriina lyange ikulu mu b'amawanga; era obubaani buweerwayo mu buli kifo eri eriina lyange, n'ekiweebwayo ekirongoofu: kubanga eriina lyange ikulu mu b'amawanga, bw'atumula Mukama w'eigye. 12Naye imwe mulivumisia kubanga mutumula nti Emeeza ya Mukama eyonoonekere, n'ebibala byayo, niiyo mere ye, ebulamu ka buntu.13Era mutumula nti Bona, omulimu guno nga guyingire! era mugisoozerye, bw'atumula Mukama w'eigye; era muleetere ekyo ekyanyagiibwe olw'amaani, n'ekiwenyera, n'ekirwaire; mutyo bwe muleeta ekiweebwayo: nandikiriirye ekyo mu mukono gwanyu? bw'atumula Mukama. 14Naye oyo abbeya akolimirwe, alina enume mu kisibo kye, ne yeeyama n'awaayo sadaaka eri Mukama ekintu ekiriko obuleme: kubanga nze ndi kabaka mukulu, bw'atumula Mukama w'eigye, n'eriina lyange lya ntiisia mu b'amawanga.
1Kale, mwe bakabona, ekiragiro kino kyanyu. 2Bwe mutaikirirye kuwulira era bwe mutaikirirye kukiteeka ku mwoyo okuwa eriina lyange ekitiibwa, bw'atumula Mukama w'eigye, kale ndiweererya ku imwe ekikolimo ekyo, era ndikolimira emikisa gyanyu: niiwo awo, malire okugikolimira, kubanga temukiteeka ku mwoyo.3Bona, ndinenya ensigo ku lwanyu, era ndisiiga obusa ku maiso ganyu,obusa obwa sadaaka gyanyu; naimwe mulitoolebwawo wamu nabwo. 4Awo mulimanya nga nze naweereirye ekiragiro kino gye muli, endagaano yange ebbe no Leevi, bw'atumula Mukama w'eigye.5Endagaanu yange yabanga naye ey'obulamu n'emirembe; era nabimuwaire ebyo kaisi atye, n'antya n'atekemukira eriina lyange. 6Eiteeka ery'amazima lyabbanga mu munwa gwe, so n'obutali butuukirivu tebwabonejere mu mimwa gye: yatambulanga nanze mu mirembe n'obugolokofu, n'akyusanga bangi okuleka obutali butuukirivu. 7Kubanga emimwa gya kabona gyandinywezerye okumanya, era bandisagiire amateeka mu munwa gwe: kubanga niiye mubaka wa Mukama w'eigye.8Naye imwe mukyukire mukyamire mu ngira; musitazirye bangi mu mateeka; mwonoonere endagaanu ya Leevi, bw'ayogera Mukama w'eigye. 9Nzeena kyenviire mbafuula abanyoomebwa ababulamu ko buntu mu maiso g'abantu bonabona, nga bwe mutakwata magira gange naye ne muteekayo omwoyo eri amaiso g'abantu mu mateeka.10Fenafena tubula itawaisu mumu? Ti Katonda omumu eyatutondere? tukuusiryekuusirye ki buli muntu mugande we, nga twonoona endagaano ya Bazeiza baisu? 11Yuda akuusiryekuusirye, era bakola eky'omuzizo mu Isiraeri no mu Yerusaalemi: kubanga Yuda ayonoonere obutukuvu bwa Mukama bw'ataka, era akweire omuwala wa katonda omunaigwanga. 12Akola atyo Mukama alimuzikiririrya oyo azuuka n'oyo avugira, okuva mu weema gya Yakobo, n'oyo awaayo ekiweebwayo , eri Mukama w'eigye:13Era ne kino kyona mukikola: mubiika ekyoto kya Mukama amaziga n'okukunga n'okuweera ebikowe, n'okuteekayo n'atateekayo ate mwoyo eri ekiweebwayo so takikirirya mu mukono gwanyu ng'asiimire.14Kubanga Mukama yababnga mujulizi eri igwe n'eri omukali ow'omu buvubuka bwo, gwe wakuusiryekuusirye, waire nga niiye mwinawo era omukali gwe walagaine naye endagaano. 15Era teyakolere mumu? waire ng'alina omwoyo ogwafikirewo? Era yakoleire ki omumu? Yabbaire asagira eizaire eriritya Katonda. Kale mwekuumenga omwoyo gwanyu, so tewabbangawo akuusakuusa omukali ow'omu buvubuka bwe. 16Kubanga nkyawa okubbinga abakali, bw'atumula Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abiika ekivaalo kye n'ekyeju, bw'atumula Mukama w'eigye: kale mwekuumenga omwoyo gwanyu muleke okukuusakuusanga.17Mwakoowerye Mukama n'ebigambo byanyu. Era naye mutumula nti Twamukoowerye tutya? Kubanga mutumula nti Buli muntu akola obubbiibi abba musa mu maiso ga Mukama, era abasanyukira; oba Katonda mwene musango ali waina?
1Bona, ntuma omubaka wange; naye alirongoosa engira mu maiso gange: era Mukama gwe musagira aliiza mu yeekaalu ye nga tebamanyiriire; n'omubaka w'endagaanu gwe musanyukira, bona, aiza; bw'atumula Mukama w'eigye. 2Naye yani ayinza okugumiinkiriza olunaku olw'okuwiza kwe? era yani alyemerera iye bw'aliboneka? kubanga alisooti omusyo gw'oyo alongoosa efeeza, era nga sabuuni ow'aboozi: 3era alityama ng'oyo alongoosa efeeza n'agimalamu amasengere, era alirongoosa bataane ba Leevi, era alibasengeja ng'ezaabu n'efeeza; awo baliwaayo edi Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu.4Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi kaisi ne kisanyusa Mukama nga mu naku ejeira era nga mu myaka egyabitirewo. 5Era ndibasemberera okusala omusango; era ndibba mujulizi mwangu eri abalogo n'eri abenzi n'eri abalayira eby'obubbeyi; n'eri abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; namwandu abula itaaye, ababbinga munaigwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw'atumula Mukama w'eigye.6Kubanga nze Mukama tinkyuka: imwe, bataane ba Yakobo, kyemuva muleka okumalibwawo. 7Okuva ku naku gya bazeiza banyu nga mukyuka okukyama mu biragiro byange, so temubikwatanga: Mwire gye ndi, nzeena naira gye muli, bw'atumula Mukama w'eigye. Naye mutumula nti Twaira tutya?8Omuntu alinyaga Katonda? naye imwe munnyaga nze. Naye mutumula nti Twakunyagire tutya? Mwanyagireku ebitundu eby'eikumi n'ebiweebwayo. 9Mukolimiirwe ekikolimo ekyo; kubanga munyaga nze; eigwanga lino lyonalyona.10Muleete ekitundu eky'eikumi ekiramba mu igwanika, enyumba yange ebbemu emere, era munkeme nakyo, bwatumula Mukama w'eigye, oba nga tindibaigulirawo ebituli eby'omu igulu, ne mbafukira omukisa, ne watabba na ibanga wegulibba. 11Era ndinenya omuli ku lwanyu, so talizikirirya bibala bye itakali lyanyu; so n'omuzabbibu gwanyu tegulikunkumula bibala byagwo mu nimiro entuuko nga gikaali kutuuka, bw'atumula Mukama w'eigye. 12Era amawanga gonagona galibeeta bo mukisa: kubanga mulibba nsi esanyusa, bw'atumula Mukama w'eigye.13Ebigambo byanyu byabanga biwaganyali eri nze, bw'atumula Mukama. Era naye mutumula nti Twakutumwireku tutya? 14Mwatumwire nti Okuweereza Katonda kwo bwereere: era kugasa ki nga tukwaite ebyo bye yakuutiire, era nga tutambuliire mu maiso ga Mukama w'eigye nga tutokootereire? 15Era atyanu ab'amalala betweeta ab'omukisa: niiwo awo, ibo abakola obubbiibi bazimbibwa; niiwo awo, bakema Katonda ne bawonyezebwa.16Awo abo abaatya Mukama ne batumulagana bonka na bonka: Mukama n'awulisisya n'awulira, ekitabo eky'okujukirya ne kibawandiikirwa mu maiso ge abo abaatya Mukama ne balowooza eriina lye.17Era balibba bange, bw’atumula Mukama w'egiye, ku lunaku lwe ndikoleraku, balibba kintu kye nvuma; era ndibasonyiwa ng'omusaiza bw'asonyiwa omutaane niiye amuweereza. 18Awo lwe muliira ne mwawula omutuukirivu n'omubbiibi, oyo aweereza Katonda n'oyo atamuweereza.
1Kubanga, bona, olunaku lwiza, lwokya ng'ekikoomi; n'ab'amaala bonabona n'abo bonabona abakola okubbiibi balibba bisasiro: awo olunaku olwiza lulibookyerya dala, bw'atumula Mukama w'eigye, obutabalekerawo kikolo waite eitabi. 2Naye imwe abatya eriina lyange eisana ery'obutuukirivu eriribaviirayo nga lirina okuwonya mu biwaawa byayo, kale mulifuluma ne muligita ng'enyana ez'omu kisibo. 3Era muliniinirira ababbiibi; kubanga baliba ikoke wansi w'ebigere byanyu, ku lunaku lwe ndikoleraku, bw'atumula Mukama w'eigye.4Mwijukire amateeka ga Musa omwidu wange, ge namulagiririire ku Kolebu olwa Isiraeri yenayena, ebiragiro n'emisango. 5Bona, ndibatumira Eriya nabbi olunaku olukulu olw'entiisia olwa Mukama nga lukaali kutuuka. 6Era alikyusya omyoyo gwa baitawabwe eri abaana, n'omwoyo gw'abaana eri bakitawabwe; ndeke okwiza ne nkubba ensi n'ekikolimo.
1Ekitabo eky'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi, omwana wa Ibulayimu. 2Ibulayimu yazaire lsaaka; Isaaka n'azaala Yakobo; Yakobo n'azaala Yuda na bagande be; 3Yuda n'azaala Pereezi no Zeera mu Tamali; Pereezi n'azaala Keezulooni; Keezulooni n'azaala Laamu;4Laamu n'azaala Aminadaabu; Aminadaabu n'azaala Nasoni; Nasoni n'azaala Salumooni; 5Salumooni n'azaala Bowaazi mu Lakabu; Bowaazi n'azaala Obedi mu Luusi; Obedi n'azaala Yese; 6Yese n'azaala Dawudi kabaka. Dawudi n'azaala Sulemaani mu muka Uliya;7Sulemaani n'azaala Lekobowaamu; Lekobowaamu n'azaala Abiya; Abiya n'azaala Asa; 8Asa n'azaala Yekosafaati; Yekosafaati n'azaala Yolaamu; Yolaamu n'azaala Uziya;9Uziya n'azaala Yosamu; Yosamu n'azaala Akazi; Akasi n'azaala Kezeekiya; 10Kezeekiya n'azaala Manaase; Manaase n'azaala Amoni; Amoni n'azaala Yosiya; 11Yosiya n'azaala Yekoniya na bagande be, mu biseera eby'okutwalibwa e Babulooni.12Oluvannyuma olw'okutwalibwa e Babulooni, Yekoniya n'azaala Seyalutyeri; Seyalutyeri n'azaala Zerubbaberi; 13Zerubbaberi n'azaala Abiwuudi; Abiwuudi n'azaala Eriyakimu; Eriyakimu n'azaala Azoli; 14Azoli n'azaala Sadoki; Sadoki n'azaala Akimu; Akimu n'azaala Eriwuudi;15Eriwuudi n'azaala Ereyazaali; Ereyazaali n'azaala Mataani; Mataani n'azaala Yakobo; 16Yakobo n'azaala Yusufu, eyabbaire ibaye wa Malyamu, eyazaire Yesu ayietebwa Kristo. 17Gityo emirembe gyonagyona, okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi, emirembe ikumi na ina; ate, okuva ku Dawudi okutuuka ku kutwalibwa e Babulooni, emirembe ikumi na ina; ate, okuva ku kutwalibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, emirembe ikumi na ina.18N'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwabbaire kuti. Malyamu maye bwe yabbaire ng'akaali ayogerezebwa Yusufu, babbaire nga bakaali kufumbirwagana, n'aboneka ng'ali kida ky'Omwoyo Omutukuvu. 19Awo Yusufu ibaye, kubanga yabbaire muntu mutuukirivu, n'atataka kumukwatisia nsoni, yabbaire alowooza okumulekayo kyama.20bona bwe yabbaire alowooza atyo, malayika wa Mukama n'aiza gy'ali mu kirooto, n'amukoba nti Yusufu omwana wa Dawudi, totya kutwala Malyamu mukazi wo, kubanga ekida kye kya Mwoyo Mutukuvu. 21Yeena alizaala omwana wo bulenzi; weena olimutuuma eriina lye YESU; kubanga iye niiye alirokola abantu be mu bibbiibi byabwe.22Ebyo byonabyona byakoleibwe, bituukirire Mukama bye yatumuliire mu nabbi, ng'akoba nti, 23Bona, omuwala atamaite musaiza alibba ekuda, era alizaala omwana wo bulenzi, Balimutuuma eriina lye Emmanweri; eritegeezebwa nti Katonda ali naife.24Yusufu bwe yazuukukire mu ndoolo, n'akola nga malayika wa Mukama bwe yamulagiire, n'atwala mukali we, 25so teyamumanyire okutuusia lwe yamalire okuzaala omwana: n'amutuuma eriina lye YESU.
1Awo Yesu bwe yazaaliibwe mu Besirekemu eky'e Buyudaaya ku mirembe gya Kerode kabaka, bona, abagezigezi abaaviire ebuvanjuba ne baiza e Yerusaalemi, 2nga bakoba nti Ali waina oyo eyazaaliibwe Kabaka w'Abayudaaya? Kubanga twaboine emunyeenye ebuvaisana, ne twiza okumusinza. 3Kerode kabaka bwe yawuliire ne yeeraliikirira, era n'ab'e Yerusaalemi bonabona.4N'akuŋanya bakabona abakulu bonabona, n'abawandiiki ab'abantu, n'ababuulya nti Kristo alizaalibwa waina? 5Bona ne bamukoba nti Mu Beserekemu eky'e Buyudaaya: kubanga bwe kyawandiikiibwe nabbi kityo nti 6Weena Besirekemu, ensi ya Yuda, Toli mutono mu balangira ba Yuda: Kubanga afuga aliva mu niiwe, Alirunda abantu bange Isiraeri.7Awo Kerode n'ayeta abagezigezi kyama, n'ababuulirirya inu ebiseera emunyeenye bye yaakamala okuboneka. 8N'abasindika e Besirekemu, n'abakoba nti Mwabe musagire inu, mubone omwana bw'afaanana; naye bwe mumubonanga, ne mwiza munkobere nzeena kaisi ngize musinze.9Bwe bawuliire kabaka, ne bagenda; bona emunyeenye eyo, gye baboneire ebuvaisana, n'ebatangira, n'eiza n'eyemerera waigulu omwana w'ali. 10Bwe baboine emunyeenye, ne basanyuka esaayu lingi inu.11Ne bayingira mu nyumba, ne babona omwana no Malyamu maye; ne bavuunama, ne basinza omwana; ne basuwundula ensawo gyabwe, ne bamutonera ebirabo bye zaabu, n'obubaani, n'omusita. 12Katonda bwe yabalabuliire mu kirooto baleke okwirayo eri Kerode ne bairayo ewaabwe mu ngira egendi.13Bona, bwe bamalire okwaba malayika wa Mukama n'abonekera Yusufu mu kirooto, ng'amugamba nti Golokoka, otwale omwana no maye, oirukire e Misiri obbe eyo Okutuusia nze lwe ndikukoba; kubanga Kerode aiza okusaagira omwana okumwitta. 14Naye n'azuuka n'atwala omwana no maye obwire n'ayaba e Misiri; 15n'abba eyo okutuusya Kerode bwe yafiire; ekigambo kituukirire Mukama kye yatumuliire mu nabbi, ng'akoba nti Nayetere omwana wange okuva mu Misiri.16Awo Kerode, bwe yaboine ng'abalaguli baamuduulira n'asunguwala inu, n'atuma okwita abaana ab'obulenzi bonabona ababbaire e Besirekemu ne ku nsalo gyakyo gyonagyona, abaakamala emyaka ebiri n'abakaali kutuusya egyo, ng'ebiseera bye yabuuliriryemu einu abalaguzi bwe byabbaire.17Awo ekigambo nabbi Yeremiya kye yatumwire kaisi kituukirira, bwe yakobere nti 18Eidoboozi lyawuliirwe mu Laama, Okubona n'okukubba ebiwoobe ebingi, Laakeeri ng'akungira abaana be; So teyayatakire kukubbagizibwa, kubanga tewakaali waliwo.19Naye Kerode bwe yamalire okufa, bona, malayika wa Mukama n'abonekera Yusufu mu kirooto e Misiri, 20ng'akoba nti Golokoka, otwale omwana no maye, oyabe mu nsi ya Isiraeri: kubanga ababbaire basagira omwana okumwita bafwire. 21N'agolokoka, n'atwala omwana no maye, n'aiza mu nsi ya Isiraeri.22Naye bwe yawuliire nti Alukerawo niiye kabaka w'e Buyudaaya ng'asikiire itaaye Kerode, n'atya okwirayo. Naye Katonda bwe yamulabwire mu kirooto, ne yeekooloobya, n'abita ku luuyi lwe Ggaliraaya, 23n'aiza n'abba mu kyalo, erinnya lyakyo Nazaaleesi: ekigambo banabbi kye batumwire kituukirire, nti Alyetebwa Munazaaleesi.
1Mu naku egyo, Yokaana Omubatiza n'aiza ng'abuulirira mu idungu ery'e Buyudaaya, 2ng'akoba nti Mwenenye; kubanga obwakabaka obw'omu igulu buli kumpi okutuuka. 3Kubanga oyo nabbi Isaaya gwe yatumwireku, ng'akoba nti Edoboozi ly'oyo atumulira waigulu mu idungu nti Mulongoosie oluguudo lwa Mukama, Muluŋamye amangira ge.4Naye Yokaana oyo yavaalanga engoye egy'ebyoya by'eŋamira, nga yeesibire olukoba olw'eidiba mu nkende; n'emere ye yabbaire nzige no mubisi gw'enjoki egy'omu nsiko. 5Awo ne bava e Yerusaalemi no mu Buyudaaya wonawona, n'ensi yonayona eriraine Yoludaani, ne baiza gy'ali; 6n'ababatiza mu mwiga Yoludaani, nga baatula ebibbiibi byabwe.7Naye bwe yaboine Abafalisaayo abangi n'Abasadukaayo abangi nga baizirira okubatiza kwe n'abakoba nti imwe abaana b'emisota, yani eyabalabwire okwiruka obusungu obwaba okwiza? 8Mubale ebibala ebisaaniire okwenenya; 9temulowooza kutumula mu myoyo nti Tulina Ibulayimu niiye zeiza waisu: kubanga mbakoba nti Katonda asobola mu mabbaale gano okugafuuliramu Ibulayimu abaana.10Naye atyani empasa eteekeibwe ku kikolo ky'emiti: buli musaale ogutabala bibala bisa gwatemebwa, gunaasuulibwa mu musyo. 11Nze mbabatiza na maizi olw'okwenenya: naye oyo aiza enyuma wange niiye ansinga amaani, tinsaanira no kukwata ngaito gye: oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omusyo. 12Olugali lwe luli mu mukono gwe, naye alirongoosia inu eiguuliro lye; alikuŋaanyirya eŋaanu mu igwanika, naye ebisusunku alibyokya n'omusyo ogutazikira.13Awo Yesu n'ava e Galiraaya, n'atuuka ku Yoludaani eri Yokaana, amubatize. 14Naye Yokaana yabbaire ataka okumugaana, ng'akoba nti Nze neetaaga iwe okumbatiza, weena oiza gye ndi? 15Naye Yesu n'airamu n'amugamba nti Ikirirya atyanu: kubanga kitugwanira tutyo okutuukirirya obutuukirivu bwonabwona. Kaisi amwikirirya.16Awo Yesu, bwe yamalire okubatizibwa, amangu ago n'ava mu maizi: bona, eigulu ne limubikukira, n'abona Omwoyo gwa Katonda ng'aika ng'eiyemba, ng'aiza ku iye; 17bona, eidoboozi ne riva mu igulu, nga likoba nti Oyo niiye Mwana wange, gwe ntaka, gwe nsanyukira einu.
1Awo Yesu n'atwalibwa Omwoyo mu idungu okukemebwa Setaani. 2Bwe yamalire okusiiba enaku ana, emisana n'obwire, enjala n'emuluma. 3Omukemi n'aiza n'amukoba nti Oba oli Mwana wa Katonda, koba amabbale gano gafuuke emere. 4Yeena n'airamu n'akoba nti Kyawandiikibwe nti Omuntu tabbenga mulamu na mere yonka, wabula na buli kigambo ekiva mu munwa gwa Katonda.5Awo Setaani n'amutwala ku kibuga ekitukuvu n'amuteeka ku kitikiro kya yeekaalu, 6n'amukoba nti Oba oli Mwana wa Katonda, buuka ogwe wansi: kubanga kyawandiikiibe nti Alikulagiririrya bamalayika be: Mu mikono gyabwe balikuwanirira, Oleke okwesitala ekigere kyo ku ibbaale.7Yesu n'amukoba nti Kyawandiikiibwe ate nti Tokemanga Mukama Katonda wo. 8Ate Setaani n'amutwala ku lusozi oluwanvu einu, n'amulaga ensi gya bakabaka bonabona abali mu nsi, n'ekitiibwa kyagyo; 9n'amukoba nti Ebyo byonabyona naabikuwa bwewavuunama okunsinza.10Awo Yesu n'amukoba nti Vaawo yaba, Setaani: kubanga Kyawandiikiibwe nti Osinzanga Mukama Katonda wo; era omuweerezanga yenka. 11Awo Setaani n'amuleka; bona, bamalayika ne baiza, ne bamuweereza.12Awo bwe yawuliire nga Yokaana bamuwaireyo, n'airayo e Galiraaya; 13ng'aviire e Nazaaleesi, n'aiza, n'abba e Kaperunawumu, ekiri ku nyanza, mu nsi ya Zebbulooni ne Nafutaali:14ekigambo kituukirire nabbi Isaaya kye yatumwire, ng'akoba nti 15Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali, Engira y'enyanja, emitala wa Yoludaani, e Galiraaya ey'amawanga. 16Abantu ababbaire batyama mu ndikirirya, Babona omusana mungi, N'abo ababbaire batyama mu nsi y'okufa no mu kiwolyo kyakwo, Omusana gwabaikiire.17Yesu n'asookera awo okubuulira n'okukoba nti Mwenenye; kubanga okwakabaka obw'omu gulu kumpi okutuuka.18Bwe yabbaire ng'atambula ku itale ly'enyanza y'e Galiraaya, n'abona ab'oluganda babiri, Simooni gwe bayetere Peetero, no Andereya omugande, nga basuula obutiimba mu nyanza, kubanga babbaire bavubi. 19N'abakoba nti Mwize, mubite nanze, nzeena ndibafuula abavubi b'abantu. 20Amangu ago ne baleka obutiimba, ne babita naye:21N'atambulaku mu maiso n'abona ab'oluganda babiri abandi, Yakobo omwana wa Zebedaayo, no Yokaana omugande, nga bali mu lyato wamu ni itawabwe Zebidaayo, nga baluka obutiimba bwabwe; n'abeeta. 22Amangu ago ne baleka awo eryato no itawabwe, ne baaba naye.23Yesu n'abuna Galiraaya yonayona, ng'abegeresya mu makuŋaaniro gaabwe, era ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, era ng'awonya endwaire gyonagyona n'obunafu bwonabwona mu bantu. 24Ebigambo bye ne bibuna Obusuuli bwonabwona: ne bamuleetera bonabona ababbaire balwaire, ababbaire bakwatiibwe endwaire egitali gimu, n’ebibonyoobonyo, n'ab'emizimu; n'ab'ensimbu, n'ababbaire bakoozimbire; n'abawonya. 25Ebibiina bingi, nga bava e Galiraaya n’e Dekapoli n'e Yerusaalemi n’e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani ne babita naye.
1Bwe yaboine ebibiina, n'aniina ku lusozi: n'atyama wansi, abayigirizwa be ne baiza gy'ali. 2n'ayasamya omunwa gwe, n'abegeresya ng'akoba nti 3Balina omukisa abaavu mu mwoyo: kubanga abo obwakabaka abw'omu igulu niibwo bwabwe. 4Balina omukisa abali mu naku: kubanga abo balisanyusibwa.5Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi. 6Balina omukisa abalumwa enjala n'enyonta olw'obutuukirivu: kubanga abo baliikutibwa. 7Balina omukisa ab'ekisa: kubanga abo balikwatirwa ekisa. 8Balina omukisa abalina omwoyo omulongoofu: kubanga abo balibona Katonda.9Balina omukisa abatabaganya: kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda. 10Balina omukisa abayiganyizibwa olw'obutuukirivu: kubanga abo obwakabaka obw'omu igulu niibwo bwabwe.11Imwe mulina omukisa bwe babavumanga, bwe babayiganyanga, bwe babawaayiryanga buli kigambo ekibbiiibi, okubavunaanya nze. 12Musanyuke, mujaguze inu: kubanga empeera yanyu nyingi mu igulu: kubanga batyo bwe baayiganyirye banabbi abaasookere imwe.13Imwe muli munyu gwe nsi; naye omunyu bwe gujaaluka, balirungamu munyu ki? Tegukali gusaana ate, wabula okusuulibwa ewanza, abantu okuguniinirira. 14Imwe muli musana gwe nsi. Ekibuga bwe kizimbibwa ku lusozi, tekiyinzika kugisibwa.15So tebakoleerya tabaaza okugifuundikira mu kiibo; wabula okugiteeka waigulu ku kikondo kyayo; yoona ebaakira bonabona abali mu nyumba. 16Kale omusana gwanyu gwakenga gutyo mu maiso g'abantu babonenga ebigambo ebisa bye mukola, kaisi bagulumizienga Itawanyu ali mu igulu.17Temulowoozanga nti naizire okudibya amateeka oba ebya banabbi: tinaizire kudibya, wabula okutuukirirya. 18Kubanga mbakoba mazima nti Eigulu n’ensi okutuusya lwe biriwaawo, enyukuta eimu waire akatonyezie akamu ak’omu Mateeka tekaliwaawo, Okutuusa byonabyona lwe birimala okutuukirira.19Kale buli eyadibyanga erimu ku mateeka ago waire erisinga obutono era yayegeresyanga abantu atyo, alyetebwa mutono mu bwakabaka obw'omu igulu: naye buli eyakwatanga era eyayegeresyanga, oyo alyetebwa mukulu mu bwakabaka obw'omu igulu. 20Kubanga mbakoba nti obutuukirivu bwanyu bwe butaasingenga butuukiruvu bwa bawandiiki n'Abafalisaayo, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu igulu.21Mwawuliire ab'eira bwe bakobeibwe nti Toitanga naye omuntu bw'eyaitanga, yakolanga omusango: 22naye nzeena mbagamba nti buli muntu asunguwalira omugande , alikola omusango; naye yakobanga omugande nti Laka, asaaniire okutwalibwamu lukiiko, yeena nakobanga nti Musirusiru, asaaniire okusuulibwa mu Geyeena ey'omusyo.23Kale, bw'obbanga oleetere sadaaka yo ku kyoto, bw'oyema eyo n'omala oijukira nga mugande wo akuliku ekigambo, 24leka awo sadaaka yo mu maiso g'ekyoto, oireyo, osooke omale okutagabana no mugande wo, kaisi oire oweeyo sadaaka yo.25Takagananga mangu n'oyo akuwabira ng'okaali oli naye mu ngira; akuwaabira alekenga okukutwala eri katikkiro, so no katikkiro alekenga okukuwa omumbowa, era oleenga okuteekebwa mu ikomera. 26Mazima nkukoba nti Tolivaamu, okutuusya lw'olimala okukomekererya n'eipeesa erimu.27Mwawuliire bwe bakobeibwe nti Toyendanga: 28naye nzeena mbakoba nti buli muntu alingirira omukali okumwegomba, ng'amalire okumwendaku mu mwoyo gwe.29Oba ng'eriiso lyo muliiro likwesitaly litoolemu, lisuule wala: kubanga niikyo ekisinga obusa ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonagwona guleke okusuulibwa mu Geyeena. 30Era oba ng’omukono gwo omuliiro gukwesitaly, gutemeku, gusuule wala kubanga niikyo kisinga obusa ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonagwona guleke okwaba mu Geyeena.31Bakobeibwe ate nti Omuntu bw'abbinganga mukali we, amuwanga ebbaluwa ey'okumubbinga: 32naye nzeena mbakoba nti buli muntu abbinga mukali we, wabula ogw'obwenzi ng'amwenderye: n'oyo akwanga gwe babbimgire, ng'ayendere.33Mwawuliire ate ab'eira bwe bakobeibwe nti Tolayiranga byo bubbeyi, naye otuukiririryanga Mukama by'olayira: 34naye nzeena mbakoba nti Tolayiranga n'akatono, waire eigulu, kubanga niiyo entebe ya Katonda; 35waire ensi, kubanga niiyo gy'ateekaku ebigere bye; waire Yerusaalemi, kubanga niikyo ekibuga kya Kabaka omukulu.36So tolayiranga mutwe gwo, kubanga tosobola kufuula luziiri lumu oba olweru oba olwirugavu. 37Naye ebigambo byanyu bibbenga nti Niiwo awo, niiwo awo; ti niiwo awo, ti niiwo awo: naye ebisinga ebyo biva mu mubbiibi.38Mwawuliire bwe bakobeibwe nti Eriiso ligaitwenga eriiso, n’eriinu ligaitwenga eriinu: 39naye nzeena mbakoba nti Temuziyizianga mubbiibi: naye omuntu bw'akukubbanga olusaya olwo muliiro, omukyukiranga n'olwo mugooda.40Omuntu bw'atakanga okuwozia naiwe okutwala ekanzo yo, omulekeranga n'ekizibawo kyo. 41Omuntu bw’akuwalirizianga okutambula naye mairo eimu, tambulanga naye n'ey'okubiri. 42Akusabanga omuwanga; omuntu bw’atakanga okumukoopa, tomukubbanga omugongo.43Mwawuliire bwe bakobeibwe nti Otakanga mwinawo, okyawanga omulabe wo: 44naye nzeena mbakoba nti Mutakenga abalabe banyu, musabirenga ababayigganya; 45Kaisi mubbenga abaana ba Itawanyu ali mu igulu: kubanga esana niiye alyakirya ababbiibi n'abasa, abatonyeserya emaizi abatuukirivu n'abatali batuukirivu.46Kubanga bwe mwatakanga ababataka, mulina mpeera ki? n'abawooza tebakola batyo? 47Bwe mwasugiryanga bagande banyu bonka, mwabasingangawo ki? N’ab'amawanga tebakola batyo? 48Kale imwe mubbenga abatuukirivu, nga Itawanyu ali mu igulu bw'ali omutuukirivu.
1Mwekuume obutakoleranga bigambo byanyu eby'obutuukirivu mu maiso g'abantu, era bababone: kubanga bwe mwakolanga mutyo temwaweebwenga mpeera eri Itawanyu ali mu igulu. 2Kale, bw'ogabiranga abaavu, teweefuuwiranga ŋombe mu maiso go, nga bananfuusi bwe bakola mu makuŋaaniro no mu nguudo, abantu babawe ekitiibwa. Mazima mbakoba nti Bamalir okuweebwa empeera yaabwe.3Naye iwe, bw'ogabiranga abaavu, omukono gwo omugooda gulekenga okumanya omuliiro bye gukola: 4okugaba kwo kubbenga kwe kyama: kale Itaawo abona mu kyama alikuwa empeera.5Era bwe musabanga, temubbanga nga bananfuusi: kubanga bataka okusaba nga bamereire mu makuŋaaniro no ku mambali kw'enguudo, era abantu bababone. Mazima mbakoba nti Bamalire abo okuweebwa empeera yaabwe. 6Naye iwe bw'osabanga yingiranga mu kisenge mukati, omalenga okwigalawo olwigi kaisi osabe Itaawo ali mu kyama, kale Itaawo abona mu kyama, alikuwa empeera. 7Mweena bwe musabanga, temwiriŋananga mu bigambo, ng'ab'amawanga bwe bakola: kubanga balowooza nga bawulirwa olw'ebigambo byabwe ebingi.8Kale, temufaanana nga ibo: kubanga Itawanyu amaite bye mwetaaga nga mukaali kumusaba. 9Kale, musabenga muti, nti, Itawaisu ali mu igulu, Eriina lyo litukuzibwe. 10Obwakabaka bwo bwize. By'otaka bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu igulu.11Otuwe atyanu emere yaisu ey'atyanu. 12Otusonyiwe amabanja gaisu, nga feena bwe tusonyiwa abatwewolaku. 13Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole eri omubbiibi. Kubanga obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa, bibyo, emirembe n'emirembe, Amiina.14Kubanga bwe mwasonyiwanga abantu ebyonoono byabwe, Itawaisu ali mu igulu yabasonyiwanga mweena. 15Naye bwe mutaasonyiwenga bantu ebyonoono byabwe, no Itawanyu taasonyiwenga byonoono byanyu.16Ate bwe musiibanga, temubbanga nga bananfuusi, abalina amaiso ag'enaku: kubanga beeyonoona amaso gaabwe, era abantu bababone nga basiiba. Mazima mbakoba nti Bamalire okuweebwa empeera yaabwe. 17Naye iwe bw'osiibanga, osaabanga amafuta ku mutwe, onaabanga no mu maiso; 18abantu balekenga okubona ng'osiiba, wabula Itaawo ali mu kyama: kale Itaawo abona mu kyama alikuwa empeera.19Temwegisiranga bintu ku nsi kwe byonoonekera n’enyenje n'obutalage, n’abaibbi kwe basimira ne babba: 20naye mweterekeranga ebintu mu igulu, gye bitayonoonekera n'ennyenje waire obutalagge, so n'abaibbi gye batasimira; so gye bataibbira: 21kubanga ebintu byo we bibba, omyoyo gwo gwoona gye gubba.22Etabaaza y'omubiri niilyo liiso: eriiso lyo bwe ribona awamu, omubiri gwo gwonagwona gwabbanga n'okutangaala. 23Naye eriiso lyo bwe libba eibbiibi, omubiri gwo gwonagwona gwabbanga n'endikirirya. Kale okutangaala okuli mukati mu iwe bwe kubba endikirirya, endikirirya eyo eyenkana waina obunene! 24Wabula muntu ayinza kuweereza baami ababiri: kuba oba yakyawanga omumu, n'ataka ogondi; oba yagumiranga ku mumu, n'anyoomanga ogondi. Temuyinza kuweereza Katonda no mamona.25Kyenva mbakoba nti Temweraliikiriranga bulamu bwanyu, nti mulirya ki; mulinywa ki; waire omubiri gwanyu, nti mulivaala ki. Obulamu tebusiinga mere; n’omubiri tegusinga byokuvaala? 26Mubone enyonyi egy'omu ibbanga, nga tezisiga, so tegikungula, tezikuŋaanyirya mu mubideero; era Itawanyu ali mu igulu agiiriisya egyo. Imwe temusinga einu egyo?27Yani mu imwe bwe yeeraliikirira, asobola okweyongeraku ku bukulu bwe n'akaseera akamu? 28Naye ekibeeraliikirirya ki eby'okuvaala? Mulingirire amalanga ag'omu itale, bwe gamera; tegakola mulimu, so tegalanga lugoye: 29naye mbakoba nti no Sulemaani mu kitiibwa kye kyonakyona, teyavaairenga ng'erimu ku igo.30Naye Katonda bw'avaalisya atyo omwido ogw'omu itale, oguliwo atyanu, ne izo bagusuula mu kyoto, talisinga inu okuvalisya imwe, abalina okwikirirya okutono? 31Kale temweraliikiriranga nga mutumula nti Tulirya ki? oba tulinywa ki? oba tulivaala ki?32Kubanga ebyo byonabyona amawanga bye gasagira; kubanga Itawanyu ali mu igulu amaite nga mwetaaga ebyo byonabyona. 33Naye musooke musagire obwakabaka bwe n'obutuukirivu bwe; era ebyo byonabyona mulibyongerwaku. 34Kale temweraliikiriranga bye izo: kubanga olunaku olwe izo lulyeraliikirira ebyalwo. Olunaku olumu ekibbiibi kyalwo kirumala.
1Temusalanga musango, muleke okusalirwa. 2Kubanga omusango gwe musala gulibasalirwa mweena: era ekigera kye mugereramu, ekyo kye muligererwa mweena.3Ekikulingirirya ki akantu akali ku liiso lya mugande wo, naye notofaayo ku ekisiki ekiri ku liiso lyo iwe? 4Oba olimukoba otya mugande wo nti Leka nkuggyeko akantu akali ku liiso lyo; naye bona, ekisiki kikaali kiri ku liiso lyo iwe? 5Munnanfuusi iwe, sooka otooleku ekisiki ku liiso lyo iwe; kaisi obone kusa okutoolaku akantu ku liiso lya Mugande wo.6Temuwanga embwa ekintu ekitukuvu, so temusuulanga luulu gyanyu mu maiso ge mbizzi, gireke okuginiinirira n'ebigere byagyo, ne gikyuka okubaluma.7Musabe, muliweebwa; musagire, mulibona; mukonkone, muligulirwawo: 8kubanga buli muntu asaba aweebwa; asagira abona; ekonkona aligulirwawo. 9Oba muntu ki mu imwe, omwana we bw'alimusaba emere, alimuwa eibbaale; 10oba bw'alisaba ekyenyanza, alimuwa omusota?11Kale imwe, ababbiibi, nga bwe mumaite okuwa abaana banyu ebintu ebisa, Itawanyu ali mu igulu talisinga inu okubawa ebisa abamusaba? 12Kale byonabyona bye mwagala abantu okubakolanga imwe, mweena mubakolenga bo mutyo: kubanga ekyo niigo amateeka na banabbi.13Muyingire mu mulyango omufunda: kubanga omulyango mugazi, n'engira eira mu kuzikirira nene, n'abo ababitamu bangi. 14Kubanga omulyango mufunda n'engira eira mu bulamu ya kanyigo, n'abo abagibona batono.15Mwekuume banabbi ab'obubbeyi, abaizira mu bivaalo by'entaama gye muli, naye mukati niigyo emisege egisikula. 16Mulibategeerera ku bibala byabwe. Abantu banoga batya eizabbibu ku busyoono, oba eitiini ku munyaale? 17Bwe kityo buli musaale omusa gubala ebibala bisa; naye omusaale omubbiibi gubala ebibala bibbiibi.18Omusa tegusobola kubala bibala bibbiibi, so n'omusaale omubbiibi teguyinza kubala bibala bisa. 19Buli musaale ogutabala kibala kisa bagutema bagusuula mu musyo. 20Kale mulibategeerera ku bibala byabwe.21Buli muntu ankoba nti Mukama wange, Mukama wange, ti niiye aliyingira mu bwakabaka obw'omu igulu, wabula akola Itawange ali mu igulu by'ataka. 22Bangi abalinkoba ku lunaku ludi nti Mukama waisu, Mukama waisu, tetwalagulanga mu liina lyo, tetwabbinganga dayimooni mu liina lyo, tetwakolanga bya magero bingi mu liina lyo? 23Kaisi ne mbatulira nti imwe: muve we ndi mwenamwena abakolere eby'obujeemu.24Buli muntu awulira ebigambo byange ebyo, n'amala n'abikola, kyaliva afaananyizibwa n'omusaiza ow'amagezi eyazimbire enyumb ye ku lwazi: 25emaizi n'egatonya, mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'aikunta; ne bikubba enyumba eyo; so n'etegwire; kubanga yazimbiibwe ku lwazi.26Na buli muntu awulira ebigambo byange ebyo n'atabikola, alifaananyizibwa n'omusaiza abula magezi, eyazimbire enyumba ye ku musenyu: 27amaizi n'egatonya; mukoka n'akulukuta, kibuyaga n'aikunta; ne bikubba enyumba eyo; n'egwa: n'okugwa kwayo kwabbaire kunene.28Awo olwatuukire Yesu bwe yamalire ebigambo ebyo, ebibiina ne byewuunya okwegeresya kwe: 29kubanga yabegereserye nga mwene w'obuyinza, so si ng'abawandiiki baabwe.
1Bwe yaviire ku lusozi, ebibiina bingi ne bimusengererya. 2Kale, bona, omugenge n'amusemberyerya n'amusinza, n'akoba nti Mukama wange, bw'otakala, oyinza okunongoosa. 3N'agolola omukono, n'amukwataku, ng'akoba nti Ntaka; longooka. Amangu ago ebigenge bye ne birongooka.4Yesu n'amukoba nti Bona tokoberaku muntu; naye irayo weerage eri kabona, omutwalire ekitone Musa kye yalagiire, kibbe omujulizi gye bali.5Bwe yayingiire mu Kaperunawumu, omwami w'ekitongole Omurooma n'aiza gy'ali, n'amwegayirira, 6ng'akoba nti Mukama wange, mulenzi wange agalamiire mu nyumba akoozimbire, abonaabona kitalo. 7N'amukoba nti Naiza ne muwonya.8Omwami w'ekitongole Omurooma n'airamu n'akoba nti Mukama wange, tinsaanira iwe okuyingira wansi w'akasulya kange: naye tumula kigambo bugambo, mulenzi wange yawona. 9Kubanga nzeena ndi muntu mutwalibwa, nga nina baserikale be ntwala: bwe nkomba oyo nti Yaba, ayaba: n'ogondi nti Iza, aiza; n'omwidu wange nti Kola oti, bw'akola. 10Naye Yesu bwe yawuliire, ne yeewuunya, n'akoba ababitire naye nti Dala mbakoba nti Nkaali kubona kwikirirya kunene nga kuno, waire mu Isiraeri.11Nzeena mbakoba nti Bangi abaliva ebuvaisana n'ebugwaisana, abalityama awamu no Ibulayimu, no Isaaka no Yakobo, mu bwakabaka obw'omu igulu: 12naye abaana b'obwakabaka balibbingirwa mu ndikirirya eyewanza: niiyo eribba okukunga n’okuluma ensaya. 13Yesu n'akoba omwami w'ekitongole Omurooma nti Kale yaba; nga bw'oikiriirye, kibbe gy'oli kityo. Omulenzi n'awonera mu kiseera ekyo.14Yesu bwe yayingiire mu nyumba ya Peetero, n'abona maye wa mukali we ng'agalamiire alwaire omusuja. 15N'amukwata ku mukono, omusuja ne gumuwonaku; n'agolokoka, n'amuweereza.16Obwire bwabbaire buwungeire; ne bamuleetera bangi abakwatiibwe dayimooni: n'abbinga dayimooni n'ekigambo n'awonya bonabona ababbaire balwaire: 17ekigambo kituukirire ekyatumwirwe nabbi Isaaya, ng'akoba nti Iye mwene yatwaire obunafu bwaisu, ne yeetika endwaire gyaisu.18Awo Yesu bwe yaboine ebibiina bingi nga bimwetooloire, n'alagira nti Tuwunguke twabe emitala w'edi. 19Omuwandiiki omumi n'aiza; n'amukoba nti Omwegeresya, nabitanga naiwe buli gy'ewaybanga yonayona. 20Yesu n'amukoba nti Ebibbe birina obwina, n'enyonyi egy'omu ibbanga girina ebisu; naye Omwana w'omuntu abula w'ateeka mutwe gwe.21Omuyigirizwa we ogondi n'amukoba nti Mukama wange, sooka ondeke njabe nziike Itawange. 22Naye Yesu n'amukoba nti Bita nanze; leka abafu baziike abafu babwe.23N'asaabala, abayigirizwa ne babaaba naye. 24Omuyaga mungi ne gwiza mu nyanza, amayengo ne gayiika mu lyato: naye yabbaire agonere. 25Ne baiza gy'ali ne bamuzuukya, nga bakoba nti, Mukama waisu, tulokole; tufa.26N'abakoba nti Kiki ekibatiisia, abalina okwikirirya okutono? Kaisi agolokoka, n'akoma ku mpewo n'enyanza; n'eteeka inu. 27Abantu ne beewuunya, nga bakoba nti Muntu ki ono, empewo n'enyanza okumuwulira?28Naye bwe yatuukire emitala w'edi mu nsi y'Abagadaleni, ne bamusisinkana abantu babiri ababbaireku dayimooni, nga bava mu ntaana, bakambwe inu, nga wanula na muntu ayinza okubita mu ngira eyo. 29Bona, ne batumulira waigulu ne bakoba nti otuvunaana ki, Omwana wa Katonda? oizire wano kutubonyaabonya ng'entuuko gyaisu gikaali kutuuka?30Wabbairewo walaku ne we babbaire ekisibo ky'embizi nyingi nga girya. 31Dayimooni ne gimwegayirira ne gikoba nti Bw'ewatubbinga, tusindike mu kisibo ky'embizi. 32N'agikoba nti Mwabe. Ne gibavaaku, ne gyaba mu mbizi : kale, bona, ekisibo kyonakyona ne kifubutuka ne kiserengetera ku ibbangaibanga mu nyanza, ne gifiira mu maizi.33N'ababbaire bagirunda ne bairuka, ne baaba mu kibuga, ne babakobera byonabyona n'ebigambo by'ababbaireku dayimooni. 34Bona, ekyalo kyonakyona ne kiiza okusisinkana Yesu: bwe baamuboine, ne bamwegayirira okuva mu nsalo gyabwe.
1N'asaabala, n'awunguka, n'atuuka mu kibuga ky'ewaabwe. 2Awo ne bamuleetera omulwaire akoozimbire, ng'agalamiziibwe ku kitanda: naye Yesu bwe yaboine okwikirirya kwabwe, n'akoba oyo akoozimbire nti Mwana wange, guma omwoyo, ebibbiibi byo bikutoleibweku.3Kale, bona, abawandiiki abandi ne batumula mu myoyo nti Ono avoola Katonda. 4Naye Yesu bwe yamanyire ebirowoozo byabwe, n'akoba nti Kiki ekibalowoozesya obubbiibi mu myoyo gyanyu? 5Kubanga ekyangu kiriwaina okukoba nti Ebibbiibi byo bikutooleibweku, oba okukoba nti Golokoka otambule? 6Naye mutegeere ng'Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okutoolaku ebibbiibi n'akoba oyo akoozimbire nti Yemerera, ositule ekitanda kyo, oireyo mu nyumba yo.7N'agolokoka, n'ayaba ewuwe. 8Naye ebibiina bwe byaboine ne bitya, ne bigulumizia Katonda, eyawaire abantu obuyinza obwenkaniire awo. 9Yesu bwe yaviireyo n'abona omuntu, ayetebwa Matayo, ng'atyaime mu igwooleryo: n'amukoba nti Bita nanze. N'agolokoka, n'abita naye.10Awo olwatuukire bwe yabbaire ng'atyaime mu nyumba ng'alya, bona, ne waiza abawooza bangi, n'abantu ababbiibi bangi, ne batyama wamu no Yesu n'abayigirizwa be. 11Abafalisaayo bwe baboine, ne bakoba abayigirizwa be nti Omwegeresya wanyu kiki ekimuliisia n'abawooza n'abantu ababbiibi?12Naye bwe yawuliire, n'akoba nti Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwaire. 13Naye mwabe mwege amakulu g'ekigambo kino nti Ntaka kisa, so ti sadaaka kubanga tinaizire kweta batuukirivu, wabula abantu ababbiibi.14Kaisi ne waiza w'ali abayigirizwa ba Yokaana ne bakoba nti Kiki ekitusiibya ife n'Abafalisaayo emirundi emingi, naye abayigirizwa bo tebasiiba? 15Yesu n'abakoba nti Abaana ab'omu mbaga ey'obugole bayinza batya okunakuwala akweire omugole ng'akaali nabo? naye enaku gyaba okwiza akweire omugole lw'alibatoolebwaku, kaisi ne basiiba.16Wabula muntu atunga kiwero ekiyaka mu kivaalo ekikaire; kubanga ekyo ekitungibwamu kikanula ekivaalo, n'ekituli kyeyongera okugaziwa.17So tebafukire mwenge musu mu nsawo gya mawu enkaire; kubanga bwe bakolere batyo, ensawo egy'amawu gikanuka, n'omwenge guyiika, n'ensawo egy'amawu gifaafaagana: naye bafuka omwenge omusu mu nsawo egy'amawu enjaaka, byombiri birama.18Bwe yabbaire ng'akaali akoba ebigambo ebyo, ne waiza omwami omumu, n'amusinza n'agakoba nti Omuwala wange atyanu afiire: naye iza omuteekeku omukono, yalamuka. 19Yesu n'agolokoka n'amusengererya, n'abayigirizwa be.20Awo omukali eyabbaire alwaliire ekikulukuto ky'omusaayi emyaka ikumi n'eibiri, n'aiza enyuma we, n'akoma ku lukugiro lw'ekivaalo kye: 21kubanga yatumwire mu mwoyo gwe nti Bwe nakwata obukwati ku kivaalo kye naawona. 22Naye Yesu bwe yakyukire n'amubona, n'akoba nti Mwana wange, guma omwoyo; okukwikirirya kwo kukuwonyerye. Omukali n'awona okuva mu kiseera ekyo.23Yesu bwe yatuukire mu nyumba y'omwami oyo, n'abona abafuuwa endere, n'ekibiina nga bakubba ebiwoobe, 24n'akoba nti Muveewo: kubanga omuwala tafiire, agonere bugoni. Ne bamusekerera inu.25Naye ekibiina bwe kyamalire okubbingibwawo, n'ayingira, n'amukwata ku mukono; omuwala n'agolokoka. 26Ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi edi yonayona.27Naye Yesu bwe yaviireyo, abazibe b'amaiso babiri ne bamusengererya, nga batumulira waigulu nga bakoba nti Tusaasire, igwe omwana wa Dawudi. 28Bwe yatuukire mu nyumba, abazibe b'amaiso ne baiza gy'ali: Yesu n'abakoba nti Mwikirirya nga nsobola okukola kino? ne bamukoba nti Niiwo awo, Mukama waisu.29Kaisi n'akwata ku maiso gaabwe ng'akoba nti Nga bwe mwikiriirye kibbe gye muli kityo. 30Amaiso gaabwe ne gazibuka. Yesu n'abakuutira ng'akoba nti Mubone tewabba muntu amanya. 31Naye ne bafuluma, ne babunya ebigambo bye mu nsi edi yonayona.32Awo bwe baabbaire bafuluma ne bamuleetera kasiru, ng'aliku dayimooni. 33N'abbinga dayimooni, kasiru n'atumula; ebibiina ne byewuunya, ne bikoba nti Eira n'eira tewabonekanga kiti mu Isiraeri. 34Naye Abafalisaayo ne bakoba nti Abbinga dayimooni ku bwa mukulu wa dayimooni.35Yesu n'abitabita mu bibuga byonabyona, n'embuga gyonana, ng'ayegeresya mu makuŋaaniro gaabwe, ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, ng'awonya endwaire gyonagyona n'obunafu bwonabwona. 36Bwe yaboine ebibiina, n'abisaasira, kubanga babbaire bakoowere inu nga basaansanire, ng'etaama egibula musumba.37Kaisi n'akoba abayigirizwa be nti Eby'okukungula niibyo ebingi, naye abakozi niibo abatono. 38Kale musabe Omwami w'eby'okukungula, asindike abakozi mu by'okukungula bye.
1N'ayeta abayigirizwa be eikumi n'ababiri, n'abawa obuyinza ku dayimooni omubbiibi, okumubbinganga, n'okuwonyanga endwaire gyonagyona n'obunafu bwonabona.2Abatume abo eikumi n'ababiri, amaina gaabwe niigo gano: eyasookere niiye Simooni, ayetebwa Peetero, no Andereya mugande we; Yakobo omwana wa Zebbedaayo, no Yokaana mugande we; 3Firipo, no Batolomaayo; Tomasi, no Matayo omuwooza; Yakobo omwana wa Alufaayo, no Sadayo; 4Simooni Omukananaayo, no Yuda Isukalyoti, niiye yamuliiremu olukwe.5Yesu n'abatuma abo eikumi n'ababiri n'ababuulirira, ng'akoba nti Temwabanga mu mangira g'ab'amawanga, so temuyingiranga mu bibuga by'Abasamaliya; 6naye waakiri mwabe eri entama egyagotere egy'omu nyumba ya Isiraeri. 7Bwe munbanga mutambula mubuulirenga nga mukoba nti Obwakabaka obw'omu igulu bulikumpi okutuuka.8Muwonyenga abalwaire, muzuukizienga abafu, mulongoosenga abagenge, mubbingenga dayimooni: mwaweweibwe buwi, mweena muwenga buwi. 9Temubbanga ne zaabu, waire efeeza, waire ebikomo mu nkoba gyanyu; 10so n'ensawo etambula, waire ekanzo eibiri, waire engaito, waire omwigo: kubanga akola emirimu asaanira okuweebwa emere ye.11Naye buli kibuga kye mwayingirangamu, oba mbuga, musagirengamu omuntu bw'ali asaana; mugonenga omwo okutuusya lwe mulivaayo. 12Bwe mwayingiranga mu nyumba, mugisugiryenga. 13Enyumba bw'esaananga, emirembe gyanyu gisenga ku iyo: naye bw'etasaananga, emirembe gyanyu giirenga gye muli.14Era omuntu bw'atabasemberyanga waire okuwulira ebigambo byanyu bwe muvanga mu nyumba eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu ey'omu bigere byanyu. 15Dala mbakoba nti ensi ye Sodoma ne Gomola eribba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiinkirizika ku lunaku olw'omusango, okusinga ekibuga ekyo.16Bona, nze mbatuma ng'entama wakati mu misege: kale mubbanga n'amagezi ng'emisota, era mubanga ng'amayemba obutabba no bukuusa. 17Naye mwekuumanga abantu: kubanga balibawaayo mu nkiiko, no mu makuŋaaniro gaabwe balibakubbiramu; 18era mulitwalibwa eri abaamasaza n'eri bakabaka okubalanga nze, okubba obujulizi eri ibo n'ab'amawanga.19Naye bwe babawangayo, temweraliikiranga nti Twakoba tutya? nti Twatumula ki? kubanga muliweebwa mu kiseera ekyo bye mulitumula. 20Kubanga ti niimwe mutumula, wabula Omwoyo gwa Itawanyu niiye atumulira mu imwe.21Ow'oluganda yawangayo mugande we okufa, no itaaye omwana: n’abaana bajemeranga ababazaala, n’okubaitisya. 22Mwkyayibwanga abantu bonabona okubalanga eriina lyange: naye alinyiikira okutuuka ku nkomerero, niiye alirokoka. 23Bwe bababbinganga mu kibuga ekyo, mwirukira mu ky'okubiri: kubanga dala mbakoba nti Temulibunya bibuga bya Isiraeri, okutuusya Omwana w'omuntu lw'aliiza.24Omuyigirizwa tasinga amwegeresya, so n'omwidu tasinga mukama we. 25Kimumala omuyigirizwa okubba ng'amwegeresya, n'omwidu okubba nga mukama we. Oba nga beetere mwene nyumba Beeruzebuli, tebalisinziawo abo abali mu nyumba ye?26Kale temubatyanga: kubanga wabula kigambo ekyabikiibwe, ekitalibikkulibwa, waire ekyagisiibwe, ekitalimanyibwa. 27Kye mbakobera mu ndikirirya, mukitumuliranga mu musana: kye muwulira mu kitu, mukibuuliriranga waigulu ku nyumba.28So temubatyanga abaita omubiri, naye nga tebasobola kwita bulamu: naye mumutyenga asobola okuzikirizya obulamu n'omubiri mu Geyeena. 29Enkalyaluya eibiri tebagitundamu eipeesa limu? era tewalibba n'eimu ku igyo erigwa wansi Itawanyu nga tamaite: 30era n'enziiri gyanyu egy'oku mutwe gyabaliibwe gyonagyona. 31Kale temutyanga; imwe musinga enkalyaluya enyingi.32Kale buli muntu yenayena alinjatulira mu maiso g'abantu, nzeena ndimwatulira mu maiso ga Itawange ali mu igulu. 33Naye yenayena alineegaanira mu maiso g'abantu, nzeena ndimwegaanira mu maiso ga Itawange ali mu igulu.34Temulowooza nti naizire kuleeta mirembe ku nsi: ti naizire kuleeta mirembe, wabula ekitala. 35Kubanga naizire kwawukanya omwana no itaaye, omuwala no maye, omugole no nazaala we; 36abalabe b'omuntu baabbanga bo mu nyumba ye.37Ataka itaaye oba maye okubasinga nze, tansaanira; ataka mutane oba muwala we okubasingya nze, tansaanira. 38N'oyo atakwata musalaba gwe n'ansengererya enyuma wange, tansaanira. 39Abona obulamu bwe alibugotya; agotya obulamu bwe ku lwange alibubona.40Aikirirya imwe ng'aikiriirye niinze, aikirirya nze ng'aikirirye eyantumire. 41Aikirirya nabbi mu liina lya nabbi aliweebwa empeera ya nabbi; naye aikirirya omutuukirivu mu liina ly'omutuukirivu aliweebwa empeera y'omutuukirivu.42Era buli amuwa okunywa omumu ku abo abatono ekikompe ky'amaizi amawoolu kyoka, mu liina ly'omuyigirizwa, mazima mbakoba nti empeera ye terimugota n'akatono.
1Awo olwatuukire Yesu bwe yamalire okulagira abayigirizwa be eikumi n'ababiri, n'avaayo n'ayaba okwegeresya n'okubuulira mu bibuga byabwe. 2Naye Yokaana bwe yawuliire mu ikomera ebikolwa bya Kristo; n'atuma abayigirizwa be, 3okumukoba nti niiwe oyo aiza oba tulindirire ogondi?4Yesu n'airamu n'abakoba nti Mwireyo mutegeeze Yokaana bye muwulira ne bye mubona: 5abazibe amaiso babona, n'abaleme batambula, n'abagenge balongoosebwa, n'abaigavu b’amatu bawulira, n'abafu bazuukizibwa, n'abanaku babuulirwa enjiri. 6Naye yenayena alina omukisa atalineesitalaku7Boona bwe baabire, Yesu n'asooka okwogera n’ebibiina ku Yokaana nti Kiki kye mwagendereire mu idungu okulingirira? lugada olusisikibwa n'empewo? 8Naye kiki kye mwagendereire okubona? omuntu avaaire eginekaaneka? Bona, abavaala eginekaaneka babba mu nyunba gya bakabaka.9Naye kiki kye mwagendereire? okubona nabbi? Niiwo awo, mbakoba, era asingira dala nabbi. 10Oyo niiye yawandiikwaku nti Bona, ntuma omubaka wange mu maaso go, Alikukulembera alirongoosa ekkubo lyo.11Ddala mbagamba nti Tevanga nu abo abazaalibwa abakazi omuntu asinga Yokaana Omubatiza: naye omuto mu bwakabaka obw'omu ggulu amusinga ye. 12Okuva ku biro bya Yokaana Omubatiza okuuusa leero obwakabaka obw'omu ggulu buwaguzibwa, n'abawaguza babunyaga lwa maanyi.13Kubanga bannabbi bonna n'amateeka baalagula okutuusa ku Yokaana. 14Era oba mwagala okukkiriza, oyo ye Eriya agenda okujja. 15Alina amatu ag'okuwulira, awulire.16Naye nnaafaananya ki emirembe gino? Gifaanana n'abaana abato abatuula mu butale abayita bannaabwe, 17nga bagamba nti Twabafuuyira emirere, so nammwe temwazina; twabakubira ebiwoobe, so temwakaaba.18Kubanga Yokaana yajja nga talya so nga tanywa, ne boogera nti Aliko dayimooni. 19Omwana w'omuntu yajja ng'alya ng'anywa, ne boogera nti Laba, omuluvu oyo, era omutamiivu, mukwano gw'abawooza era ogw'abalina ebibi! Era amagezi gaweebwa obuuukirivu olw'ebikolwa byago.20N'asookera awo okubuulirira ebibuga mwe yakolera eby'amaanyi bye ebingi, kubanga tebyenenya. 21Zirikusanga ggwe Kolaziini! zirikusanga ggwe Besusayida! kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne Sidoni, singa byenenya dda, singa bali mu bibukutu ne mu vvu. 22Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango Ttuulo ne Sidoni baliba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga mmwe.23Naawe, Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka ku ggulu? olikka e Magombe: kubanga eby'amaanyi ebyakolerwa mu ggwe singa byakolerwa mu Sodomu, singa weekiri ne kaakano. 24Naye mbagamba nti Ku lunaku olw'omusango ensi y'e Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika okusinga ggwe.25Mu biro ebyo Yesu yaddamu n'agamba nti Nkwebaza, Kitange, Mukama w'eggulu n'ensi, kubanga wakisa ebigambo bino ab'amagezi n'abakabakaba n'obibikkulira abaana abato: 26weewaawo, Kitange, kubanga bwe kityo bwe kyasiimibwa mu maaso go. 27Ebintu byonna byankwasibwa Kitange: so tewali muntu amanyi Omwana wabula Kitaawe; so tewali muntu amanyi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw'ayagala okumubikkulira.28Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa nange nnaabawummuza. 29Mwetikke ekikoligo kyange, muyigire ku nze; kubanga ndi muteefu era omuwombeefu mu mutima: nammwe muliraba ekiwummulo eky'omu myoyo gyammwe. 30Kubanga ekikoligo kyange si kizibu, n'omugugu gwange mwangu.
1Awo mu biseera ebyo Yesu n'abita mu nimiro y'eŋaanu ku sabbiiti; abayigirizwa be ne balumwa enjala, ne batandika okunoga ebirimba by'eŋŋaano, ne balya. 2Naye Abafalisaayo bwe baalaba, ne bamugamba nti Laba, abayigirizwa bo bakola eky'omuzizo okukolera ku ssabbiiti.3Naye n'abagamba nti Temusomanga Dawudi bwe yakola, bwe yalumwa enjala, ne be yali nabo; 4bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya emigaati egy'okulaga egyali egy’omuzizo ye okugirya newakubadde be yali nabo, wabula bakabona bokka?5Nantiki temusomanga mu mateeka, bakabona mu yeekaalu ku ssabbiiti bwe baasobya ssabbiiti, so tebazza musango? 6Naye mbagamba nti ali wano asinga yeekaalu obukulu.7Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti Njagala ekisa, so si ssaddaaka, temwandinenyezza abatazzizza musango. 8Kubanga Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti.9N'avaayo, n'ajja mu kkuŋŋaaniro lyabwe: 10era, laba, mwalimu omu eyalina omukono ogukaze. Ne bamubuuza, nga bagamba nti Kirungi okuwonyeza omuntu ku ssabbiiti? era bamuwawaabire.11N'abagamba nti Ani mu mmwe, bw'aliba n'endiga ye emu n'emala egwa mu bunnya ku ssabbiiti, ataligikwata atagiggyamu? 12Omuntu tasinga nnyo ndiga? Kale kirungi okukola obulungi ku ssabbiiti.13N'alyoka agamba omuntu oyo nti Golola omukono gwo. N'agugolola; ne guwona, ne guba ng'ogw'okubiri. 14Naye Abafalisaayo ne bafuluma, ne bamwekobaana bwe banaamuzikiriza.15Yesu bwe yategeera n'avaayo: abantu bangi ne bagenda naye; n'awonya bonna, 16n'abakomako baleme okumwatiikiriza: 17kituukirire ekyayogererwa mu Isaaya nnabbi nti18Laba mulenzi wange gwe nnalondamu; Gwe njagala, ansanyusa emmeeme yange: Ndimuteekako Omwoyo gwange, Alibuulira amawanga omusango.19Taliyomba, so talireekaana; So tewaliba muntu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo. 20Olumuli olwatifu talirumenya, So n'enfuuzi ezinyooka talizizikiza, Okutuusa lw'alisindika omusango okuwangula. 21N'erinnya lye amawanga galirisuubira.22Awo ne bamuleetera omuntu aliko dayimooni, ng'azibye amaaso n'omumwa: n'amuwonya, oyo eyali azibye omumwa n'ayogera n'alaba. 23Ebibiina ne bisamaalirira byonna, ne byogera nti Ono ye mwana wa Dawudi?24Naye Abafalisaayo bwe baawulira, ne boogera nti Oyo tagoba dayimooni, wabula ku bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni. 25Bwe yamanya okulowooza kwabwe n'abagamba nti Buli bwakabaka bwe bwawukana bwokka na bwokka buzika; na buli kibuga oba nnyumba bw'eyawukana yokka na yokka terirwawo:26ne Setaani bw'agoba Setaani ayawukana yekka na yekka; n'obwakabaka bwe bulirwawo butya? 27Oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? kale abo be balibasalira omusango.28Naye oba nga nze ngoba dayimooni ku bw'Omwoyo gwa Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde. 29Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nju y'omuntu ow'amaanyi, n'anyaga ebintu bye, wabula ng'asoose kusiba ow'amaanyi oli? n'alyoka anyaga enju ye. 30Omuntu atabeera nange mulabe wange; era omuntu atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.31Kyenva mbagamba nti Abantu balisonyiyibwa buli kibi n'eky'okuvvoola, naye okuvvoola Omwoyo tekulisonyiyika. 32Buli muntu alivvoola Omwana w'omuntu alisonyiyibwa; naye buli muntu alivvoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa, newakubadde mu mirembe egya kaakano, newakubadde mu mirembe egigenda okujja.33Oba mufuule omuti omulungi, n'ebibala byagwo bibe birungi; oba mufuule omuti omubi, n'ebibala byagwo bibe bibi: kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo. 34Mmwe abaana b'emisota, muyinza mutya okwogera ebigambo ebirungi nga muli babi? kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera. 35Omuntu omulungi ebirungi abiggya mu tterekero lye eddungi: n'omuntu omubi ebibi abiggya mu tterekero lye ebbi.36Era mbagamba nti Buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw'omusango. 37Kubanga ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu, n'ebigambo byo bye birikusinza omusango.38Awo abawandiisi abalala n'Abafalisaayo ne bamuddamu ne bagamba nti Omuyigiriza, twagala otulage akabonero tukalabe. 39Naye n'addamu n'abagamba nti Ab'emirembe emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero: so tebaliweebwa kabonero wabula akabonero ka nnabbi Yona: 40kuba nga Yona bwe yamala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu lubuto lwa lukwata; bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'alimala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu mutima gw'ettaka.41Abantu ab'e Nnineeve baliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era balibasinza omusango: kubanga Yona bwe yababuulira ne beenenya; era, laba, asinga Yona ali wano.42Kabaka omukazi ow'omu bukiika obwa ddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era alibasinza omusango; kubanga yava ku nkomerero y'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano.43Naye dayimooni omubi bw'ava mu muntu, atambula mu nsenyi enkalu, nga anoonya aw'okuwummulira, naye n'abulwa. 44Kale agamba nti Naddayo mu nnyumba yange mwe nnava; bw'atuukamu, agiraba nga njereere, enyiridde, ng'erongoosebbwa. 45Awo agenda, n'aleeterako dayimooni abalala musanvu abamusinga obubi, nabo bwe bayingira babeera omwo: n'eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo birisinga obubi eby'olubereberye. Bwe kiriba bwe kityo eri ab'emirembe gino emibi.46Bwe yali ng'akyayogera n'ebibiina, laba, nnyina ne baganda be baali bayimiridde bweru, nga baagala kwogera naye. 47Omuntu n'amugamba nti Laba, nnyoko ne baganda bo bayimiridde bweru, baagala kwogera naawe.48Naye n'addamu n'agamba oyo amubuulidde nti Ani mmange? be baani baganda bange? 49N'agolola omukono eri abayigirizwa be, n'agamba nti Laba, mmange ne baganda bange! 50Kubanga buli akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala, ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.
1Ku lunaku olwo Yesu n'afuluma mu nyumba, n'atyama ku mbali kw'enyanza. 2Ebibiina bingi ne bimukuŋaaniraku, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'atyama; ekibiina kyonakyona ne kyemerera ku itale.3N'atumulira naibo bingi mu ngero, ng'akoba nti Bona, omusigi yafulumire okusiga; 4bwe yabbaire ng'asiga, ensigo egindi ne gigwa ku mbali kw'engira, enyonyi ne giiza ne jigirya: 5egindi ne gigwa awali enjazi, awabula itakali lingi amangu ago ne gimera, kubanga tegyabbaire n'eitakali iwanvu: 6eisana bwe lyaviireyo, ne giwotookerera kubbanga tegyabbaire n'emizi, ne gikala.7Egindi ne gigwa ku mawa; amawa ne gamera, ne gagizikya: 8egindi ne gigwa ku itakali eisa, ne gibala emere, egindi kikumi, egindi nkaaga, egindi asatu 9Alina amatu, awulire.10Abayigirizwa ne baiza ne bamukoba nti Kiki ekikutumulya nabo mu ngero? 11N'airamu n'abakoba nti Imwe muweweibwe okumanya ebigambo eby'ekyama eby'obwakabaka obw'omu igulu naye ibo tebaweweibwe. 12Kubanga buli alina, aliweebwa, era alisukirirawo: naye buli abula alitoolebwaku ne ky'ali nakyo.13Kyenva ntumula nabo mu ngero kubanga bwe babona tebabona, bwe bawulira, tebawulira, so tebategeera. 14Naye Isaaya bye yalagwire bibatuukiririire, ebyatumwirwe nti Muliwulira buwulili, naye temulitegeera; Mulibona buboni, naye temulyetegerezia:15Kuba omwoyo gw'abantu bano gusavuwaire, N'amatu gaabwe gawulira kubbiibi, N'amaiso gaabwe bagazibire; Baleke okubona n'amaiso, n'okuwulira n'amatu, N'okutegeera n'omwoyo, N'okukyuka, Ne mbawonya.16Naye amaiso ganyu galina omukisa, kubanga gabona; n'amatu ganyu, kubanga gawulira. 17Kubanga mazima mbakoba nti Banabbi bangi n'abantu abatuukirivu abegombanga okulana bye mulingirira, so tebabiboine; n'okuwulira bye muwulira, so tebabiwuliire.18Kale imwe muwulire olugero lw'omusigi. 19Buli awulira ekigambo eky'obwakabaka, nga takitegeire, omubbiibi oyo aiza, n'akwakula ekisigiibwe mu mwoyo gwe. Oyo niiye yasigiibwe ku mbali kw'engira.20N’oyo eyasigiibwe awali enjazi, niiye oyo awulira kigambo, amangu ago n'aikirirya n'eisanyu; 21naye abula mizi mukati mu iye, naye, alwawo katono; bwe wabbaawo enaku n’okuyigganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago yeesitala.22N'oyo eyasigiibwe mu mawa, niiye oyo awulira ekigambo; naye okweraliikirira kw'ensi, n'obubbeyi bw'obugaiga bizikya ekigambo, era tabala. 23N'oyo eyasigiibwe ku itakali eisa, niiye oyo awulira ekigambo, n'akitegeera; oyo dala abala dala ebibala, ogondi aleeta kikumi, ogondi nkaaga, ogondi asatu.24Awo n'abaleetera olugero olundi n'atumula nti Obwakabaka obw'omu igulu bufanaanyizibwa n'omuntu eyasigire ensigo ensa mu nimiro ye: 25naye abantu bwe babbaire bagonere omulabe we n'aiza n'asigamu eŋaanu ey'omu nsiko mu ŋaanu ensa, n'ayaba. 26Naye bwe yamerukire, bwe yayanyire, n'eboneka n'eŋaanu ey'omu nsiko.27Abaidu be ne baiza ne bakoba omwami nti Sebo, tewasigire nsigo ensa mu nimiro yo? kale yabbaire etya okubaamu eŋaanu ey'omu nsiko? 28N'abakoba nti Omulabe niiye yakolere atyo. Abaidu ne bamukoba nti Kale otaka twabe tugizubemu?29Yeena n'abakoba nti Bbe; mkoizi bwe mwabba muzubamu eŋaano ey'omu nsiko, mwatokeramu n'eŋaano yeene. 30Muleke bikule byombiri bituukye amakungula: mu biseera eby'amakungula ndibakoba abakunguli nti Musooke mukuŋaanye eŋaanu ey'omu nsiko, mugisibe emiganda eyokyebwe: naye eŋaano yeene mugikuŋaanyirye mu kideero kyange.31N'abaleetera olugero olundi, ng'akoba nti Obwakabaka obw'omu igulu bufaanana n'akaweke ka kalidaali, omuntu ke yakwaite, n'akasiga mu nimiro ye: 32koona nga niiko katono okusinga ensigo gyonagyona; naye bwe kaakulire, ne kabba kanene okusinga omwido gwonagwona, ne kaba omusaale, n'enyonyi egy'omu ibbanga nga giiza, nga gibba ku mbali gaagwo.33N'abagerera olugero olundi nti Obwakabaka obw'omu igulu bufaanana n'ekizimbulukusia, omukazi kye yakwaite, n'akiteeka mu bwibo busatu obw'obwita, n'okuzimbulukuka ne buzimbulukuka bwonabwona.34Ebigambo ebyo byonabyona Yesu yabikobeire ebibiina mu ngero; naye awabula lugero teyabakobere kigambo: 35kituukirire ekyatumwirwe mu nabbi, ng'akoba nti Ndyasamya omunwa gwange mu ngero; Ndireeta ebigambo ebyagisiibwe okuva ku kutondebwa kw'ensi.36Awo n'asebula ebibiina, n'ayingira mu nyumba: abayigirizwa be ne baiza w'ali, ne bakoba nti Tutegeeze olugero olw'eŋaanu ey'omu nsiko eyabbaire mu nimiro. 37N'airamu n'akoba nti Asiga ensigo ensa niiye Mwana w'omuntu; 38enimiro niiye nsi; ensigo ensa, abo niibo baana b'obwakabaka; n'eŋaanu ey'omu nsiko niibo baana b'omubbiibi; 39omulabe eyagisigire niiye Setaani: amakungula niiyo enkomerero y'ensi; n'abakunguli niibo bamalayika.40Kale ng'eŋaanu ey'omu nsiko bw'ekuŋaanyizibwa n'eyokebwa mu musyo; kityo bwe kiribba ku nkomerero y'ensi. 41Omwana w'omuntu alituma bamalayika be, boona balitoolamu mu bwakabaka bwe ebintu byonabyona ebyesitazia, n'abo abakola okubbiibi, 42balibasuula mu kikoomi eky'omusyo: niimwo mulibba okukunga amaliga n'okuluma onsaya. 43Kale abantu abatuukirivu balimasamasa ng'eisana mu bwakabaka bwa Itaaye. Alina amatu, awulire.44Obwakabaka obw'omu igulu bufaanana n'eky'obugaiga ekyagisibwe mu lusuku; omuntu n'akibona, n'akigisa; n'olw'eisanyu lye n'ayaba n'atunda by'ali nabyo byonabyona, n'agula olusuku olwo. 45Ate, obwakabaka obw'omu igulu bufaanana omuntu omutundi asagira eruulu ensa: 46bwe yaboine eruulu eimu ey'omuwendo omungi, n'ayaba n'atunda by'ali nabyo byonabyona, n'agigula.47Ate, obwakabaka obw'omu igulu bufaanana ekirezi, kye baswire mu nyanza, ne kikuŋaanya ebya buli ngeri: 48bwe kyaizwire, ne bakiwalulira ku itale; ne batyama, ne bakuŋaanyirya ebisa mu nkanga, ebibbiibi ne babisuula.49Kityo bwe kiribba ku nkomerero y'ensi: bamalayika baliiza, balyawulamu abantu ababbiibi mu batuukirivu, 50balibasuula mu kikoomi eky'omusyo: niimwo mulibba okukunga amaliga n'okuluma ensaya.51Mubitegeire ebigambo bino byonabyona? Ne bamukoba nti Niiwo awo. 52N'abakoba nti Buli muwandiiki eyayegereseibwe eby'obwakabaka obw'omu igulu, kyava afaanana n'omuntu alina enyumba ye, atoola mu igisiro lye ebintu ebiyaka n'ebikaire. 53Awo olwatuukire Yesu bwe yamalire engero gino, n'avaayo.54Bwe yatuukire mu nsi y'ewaabwe n'abegeresya mu ikuŋaaniro lyabwe, n'okuwuniikirira ne bawuniikirira, ne bakoba nti ono yatoire waina amagezi gano, n'eby'amaani bino? 55Ono ti niiye mwana w'omubaizi? maye ti niiye gwe beeta Malyamu? ne bagande be Yakobo, no Yusufu, no Simooni, no Yuda? 56Na bainyina be bonabona tebali waife? Kale ono yatoire waina ebigambo bino byonabyona?57Ne bamunyiigira. Naye Yesu n'abakoba nti Nabbi tabulwa kitiibwa, wabula mu nsi y'ewaabwe, no mu nyumba y'ewaabwe. 58So teyakolereyo bya magero bingi olw'obutaikirirya bwabwe.
1Mu biseera bidi Kerode ow'eisaza n'awulira eitutumu lya Yesu, 2n'akoba abaidu be nti Oyo niiye Yokaana Omubatiza; azuukiire mu bafu; era eby'amaani bino kyebiviire bikolera mu iye.3Kubanga Kerode yabbaire akwaite Yokaana, n'amusiba, n'amuteeka mu ikomera olwa Kerodiya, mukali wa Firipo omugande. 4Kubanga Yokaana yamukobere nti Kyo muzizo iwe okubba naye. 5Bwe yabbaire ataka okumwita, n'atya abantu, kubanga baamulowoozere nga niiye nabbi.6Bwe lwatuukire olw'okwijukira amazaalibwa ga Kerode, omuwala wa Kerodiya n'akina mu maiso gaabwe, n'asanyusya Kerode. 7Awo n'alayira n'asuubizia okumuwa kyonakyona ky'eyasaba.8Naye, bwe yaweereirwe maye, n'akoba nti Mpeera wano mu lujo omutwe gwa Yokaana Omubatiza. 9Kabaka n'alumwa; naye olw'ebirayiro bye, n'olw'abo ababbaire batyaime nga balya naye, n'alagira okugumuwa;10n'atuma, n'atemaku Yokaana omutwe mu ikomera. 11Ne baleeta omutwe gwe mu lujo, ne baguwa omuwala: n'agutwalira maye. 12Abayigirizwa be ne baiza, ne basitula omulambo, ne bamuziika; ne baaba ne babuulira Yesu.13Awo, Yesu bwe yawuliire, n'aviirayo mu lyato, n'ayaba awali eidungu kyama: ebibiina bwe byawuliire, ne biva mu bibuga ne bimusengererya nga bibita ku lukalu. 14N'avaayo, n'abona ekibiina kinene, n'abasaasira, n'awonya abalwaire baabwe.15Bwe bwawungeire, abayigirizwa ne baiza w'ali, ne bakoba nti Wano dungu, obwire bubitire inu; siibula abantu, baabe mu bibuga, beegulire emere.16Naye Yesu n'abakoba nti Wabula kibairisyayo; imwe mubawe ebyokulya. 17Ne bamukoba nti Tubula kintu wano wabula emigaati itaano, n'ebyenyanza bibiri. 18N'akoba nti Mubindeetere wano.19N'alagira ebibiina okutyama ku mwido; n'atwala emigaati eitaano n'ebyenyanza ebibiri, n'alinga waigulu mu igulu, ne yeebalya, n'amenyamu emigaati n'agiwa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ebibiina. 20Ne balya bonabona, ne baikuta: ne bakuŋaanya obukunkumuka obwasigairewo, ebiibo ikumi na bibiri ebyaizwire. 21Boona abaliire babbaire abasaiza ng'enkumi itaanu, abakali n'abaana obutabateekaku:22Amangu ago n'awalirizya abayigirizwa okusaabala, bamutangire okwaba eitale w'edi, amale okusebula ebibiina. 23Bwe yamalire okusebula ebibiina, n'aniina ku lusozi yenka okusaba: obwire bwe bwawungeire, yabbaireyo mumu. 24Naye eryato lyabbaire limalire okutuuka mu buliba, nga lyesunda n'amayengo, kubanga omuyaga gwabafulumire mu maiso.25Awo obwire mu kisisimuko eky'okuna n'aiza gye bali, ng'atambula ku nyanza. 26Abayigirizwa bwe baamuboine ng'atambula ku nyanza, ne beeraliikirira, ne bakoba nti Dayimooni; ne beekanga nga batya. 27Amangu ago Yesu n'atumula nabo, n'agamba nti Mwiremu omwoyo: niinze ono; temutya.28Peetero n'aimuramu n'agamba nti Mukama wange, oba nga niiwe oyo, ndagira ngize gy'oli ku maizi. 29N'akoba nti iza. Peetero n'ava mu lyato, n'atambulira ku maizi, okwaba eri Yesu. 30Naye, bwe yaboine omuyaga, n'atya: n'atandika okusaanawo, n'akunga, n'akoba nti Mukama wange, ndokola.31Amangu ago Yesu n'agolola omukono, n'amukwata, n'amukoba nti Iwe alina okwikirirya okutono, kiki ekikubuusiryebuusirye? 32Bwe baniinire mu lyato, omuyaga ne guwaawo. 33Boona ababbaire mu lyato ne bamusinza, nga bakoba nti Mazima oli Mwana wa Katonda.34Bwe baamalire okuwunguka, ne batuuka ku bukalu obw'e Genesaleeti. 35Abantu baayo bwe baamumanyire, ne batuma mu nsi eyo yonayona eriraanyeewo, ne bamuleetera bonabona abalwaire; 36ne bamwegayirira bakwateku bukwati ku lukugiro lw'ekivaalo kye; bonabona abakwaiteku ne bawonyezebwa dala.
1Awo ne baiza eri Yesu Abafalisaayo n'abawandiiki abaviire mu Yerusaalemi, nga bakoba nti 2Abayigirizwa bo kiki ekiboonoonyesya obulombolombo bwe twaweweibwe abakaire? kubanga tebanaaba mu ngalo nga balya emere. 3N'abairamu n'abakoba nti Mweena kiki ekiboonoonesia eiteeka lya Katonda olw'obulombolombo bwe mwaweweibwe?4Kubanga Katonda yakobere nti Otekangamu ekitiibwa Itaawo no mawo: ate nti Avumanga itaaye oba maye, bamwitanga bwiti. 5Naye imwe mbakoba nti Buli alikoba itaaye oba maye nti Kyonakyona kye nandikuwaire okukugasa, nkiwaire Katonda, 6alireka okuteekamu ekitiibwa itaaye. Mwadibirye ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwanyu bwe mwaweweibwe.7Imwe bananfuusi, Isaaya yalagwire kusa ku imwe, ng'akoba nti 8Abantu bano banteekamu ekitiibwa kyo ku minwa; Naye omwoyo gwabwe gundi wala. 9Naye bansinzizia bwereere, Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga niibyo by'okukwata.10N'ayeta ekibiina, n'abakoba nti Muwulire, mutegeere: 11ekiyingira mu munwa ti niikyo kyonoona omuntu; naye ekiva mu munwa, ekyo niikyo kyonoona omuntu.12Awo abayigirizwa ne baiza, ne bamukoba nti Omaite Abafalisaayo nga baanyiiga, bwe baawulira ekigambo ekyo? 13Naye n'airamu n'akoba nti Buli kisimbe itawange ow'omu igulu ky'atasimbire, kirisimbulibwa. 14Mubaleke: noibo basaale abatabona. Naye omuzibe w'amaiso bw'atangira muzibe mwinaye bombiri baligwa mu kiina.15Peetero n'airamu n'amukoba nti Tunyonyole olugero olwo. 16Naye n'akoba nti Era mweena mukaali kubba na magezi. 17Temutegeera nti buli ekiyingira mu munwa kyaba mu kida, ne kisuulibwa mu kiyigo?18Naye ebifuluma mu munwa biva mu mwoyo; n'ebyo niibyo byonoona omuntu. 19Kubanga mu mwoyo mu muvamu ebirowoozo Ebibbiibi, obwiti, obwenzi, obukaba, obubbiibi, okuwaayirizia, okuvuma: 20ebyo bye byonoona omuntu: naye okulya nga tanaabire mu ngalo tekwonoona muntu.21Yesu n'avaayo, n'ayaba ku njuyi gy'e Tuulo n'e Sidoni. 22Kale, bona, omukali Omukanani n'ava ku luyi eyo, n'atumulira waigulu ng'agamba nti Onsaasire Mukama wange, omwana wa Dawudi; muwala wange alwaire inu dayimooni. 23Naye n'atamwiramu kigambo. Abayigirizwa be ne baiza ne bamwegayirira, nga bakoba nti Musebule; kubanga atuwowoganira enyuma.24Naye n'airamu n'akoba nti Tinatumiibwe wabula eri entama egyagotere ez'omu nyumba ya Isiraeri. 25Naye n'aiza, n'amusinza, ng'akoba nti Mukama wange, mbeera. 26N'airamu n'akoba nti Ti kisa okukwata emere y'abaana n'okugisuulira obubbwa.27Naye n'akoba nti Niiwo awo, Mukama wange: kubanga n'obubbwa bulya obukunkumuka obugwa okuva ku meenza ya bakama baabwo. 28Yesu kaisi nairamu n'amugamba nti iwe omukali, okwikirirya kwo kunene: kibbe gy'oli nga bw'otaka. Omuwala we n'awona okuva mu kiseera ekyo.29Yesu n'avaayo, n'aiza ku itale ly'enyanza y'e Galiraaya; n'aniina ku lusozi, n'atyama okwo. 30Ebibiina bingi ne biiza gy'ali, nga birina abawenyera, n'abazibe b'amaiso, ne bakasiru, n'abaleme, n'abandi bangi, ne babateeka awali ebigere bye; n'abawonya: 31ekibiina n'okwewuunya ne beewuunya, bwe baboine bakasiru nga batumula, abaleme nga balamu, abawenyera nga batambula, n'abazibe b'amaiso nga babona: ne bagulumiza Katonda wa Isiraeri.32Yesu n'ayeta abayigirizwa be, n'akoba nti Nsaasira abantu kubanga atyanu baakamala nanze enaku isatu nga tebalina kyo kulya: n'okubasebula nga balina enjala tinkitaka, koizi bazirikira mu ngira. 33Abayigirizwa ne bamukoba nti Twatoola waina emigaati emingi giti mu idungu, okwikutya ekibiina ekinene ekyekankana wano? 34Yesu n'abagamba nti Mulina emigaati imeka? Ne babakoba nti Musanvu, n'ebyenyanza bitono ti bingi. 35N'alagira ekibiina okutyama wansi;36n'atoola emigaati musanvu n'ebyenyanza; ne yeebalya n'amenyamu n'awa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ebibiina. 37Ne balya bonabona, ne baikuta: ne bakuŋaanya obukunkumuka obwasigairewo, ebiibo musanvu ebyaizwire. 38Boona abaliire babbaire abasajja enkumi ina, abakali n'abaana obutabateekaku. 39N'asebula ebibiina, n'asaabala mu lyato, n'aiza mu luyi lwa Magadani.
1Abafalisaayo n'Abasadukaayo ne baiza, ne bamukema ne bamusaba okubalaga akabonero akava mu igulu. 2Naye n'airamu n'abakoba nti Bwe bubba eigulo, mukoba nti Bwabba busa: kubanga eigulu limyukire.3N'eizo nti Wabba omuyaga atyanu: kubanga eigulu limyukire libindabinda. Mumaite okwawula eigulu bwe lifaanana; naye temusobola kwawula bubonero bwa biseera? 4Ab'emirembe embibbi era egy'obwenzi basagira akabonero; so tebaliweebwa kabonero, wabula akabonero ka Yona. N'abaleka, n'ayaba.5Abayigirizwa ne baiza eitale w'edi, ne beerabira okutwala emigaati. 6Yesu n'abakoba nti Mulingirire mwekuume ekizimbulukusya eky'Abafalisaayo n'Abasadukaayo. 7Ne bawakana bonka na bonka, nga bakoba nti Kubanga tetuleetere migaati. 8Yesu n'amanya n'akoba nti Imwe abalina okwikirirya okutono, kiki ekibawakanya mwenka na mwenka kubanga mubula migaati?9Mukaali kutegeera, so temwijukira migaati eitaanu eri abo enkumi eitaanu, n'ebiibo bwe byabbaire bye mwakuŋaanyire 10Era emigaati omusanvu eri abo enkumi eina, n'ebisero bwe byabbaire bye mwakuŋaanyirye?11Ekibalobeire ki okutegeera nti timbakobereire lwe migaati? Naye mwekuume ekizimbulukusya eky'Abafalisaayo n'Abasaddukaayo. 12Kaisi ne bategeera nti tabakobere kwekuuma kizimbulukusya kya migaati, wabula okuyigirizya kw'Abafalisaayo n'Abasadukaayo.13Awo, Yesu bwe yaizire ku njuyi gy'e Kayisaliya ekya Firipo, n'abuulya abayigirizwa be, ng'akoba nti Omwana w'omuntu abantu bamweta batya? 14Ne bakoba nti Abandi bamweta Yokaana Omubatiza; abandi nti Eriya: abandi nti Yeremiya, oba omumu ku banabbi. 15N'abakoba nti Naye imwe munjeta mutya? 16Simooni Peetero n'airadamu n'akoba nti Niiwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.17Yesu n'airamu n'amugamba nti Olina omukisa, Simooni Ba-Yona: kubanga omubiri n'omusaayi tebyakubikuliire ekyo, wabula Itawange ali mu igulu. 18Nzeena nkukoba nti Iwe Peetero, nzeena ndizimba ekanisa yange ku lwazi luno: so n'emiryango egy'Emagombe tegirigisobola.19Ndikuwa ebisulumuzo by'okwakabaka obw'omu igulu: kyonakyona ky'olisiba ku nsi kirisibibwa mu igulu: kyonakyona ky'olisuwundula ku nsi kirisuwundulwa mu igulu. 20Awo n'akuutira abayigirizwa baleke okukoberaku omuntu nti niiye Kristo.21Yesu n'asookera awo okubuulira abayigirizwa be nti kimugwanira okwaba e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa einu abakaire na bakabona abakulu n'abawandiiki, n'okwitibwa, no ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa. 22Peetero n'amutwala, n'atandiika okumunenya, ng'akoba nti Bbe, Mukama wange: ekyo tekirikubbaaku n'akatono. 23N'akyuka, n'akoba Peetero nti Ira enyuma wange, Setaani, oli nkonge gye ndi: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu.24Awo Yesu n'akoba abayigirizwa be nti Omuntu bw'ataka okwiza enyuma wange, yeefiirize yenka yeetikke omusalaba gwe, ansengererye. 25Kubanga buli ataka okulokola obulamu bwe alibugotya: na buli aligotya obulamu bwe ku lwange alibubona. 26Kubanga omuntu kulimugasia kutya okulya ensi yonayona, naye ng'afiiriirwe obulamu bwe? oba omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe?27Kubanga Omwana w'omuntu ayaba kwizira mu kitiibwa kya Itaaye na bamalayika be; kaisi n'asasula buli muntu nga bwe yakolere. 28Dala mbakoba nti Waliwo ku bano abemereire wano, abatalirega ku kufa n'akatono, okutuusya lwe balibona Omwana w'omuntu ng'aiza mu bwakabaka bwe.
1Enaku omukaaga bwe gyabitirewo Yesu n'atwala Peetero no Yakobo no Yokaana omugande, n'abaninisya ku lusozi oluwanvu bonka: 2n'afuusibwa mu maiso gaabwe: amaiso ge ne gamasamasa ng'eisana, ebivaalo bye ne bitukula ng'omusana.3Bona, Musa n'Eriya ne babonekera nga batumula naye. 4Peetero n'airamu n'akoba Yesu nti Mukama wange, kisa ife okubba wano: bw'otaka, nazimba wano ensiisira isatu; eimu yiyo, n'egindi ya Musa, n'egindi y'Eriya.5Bwe yabbaire ng'akaali atumula, Bona, ekireri ekimasamasa ne kibasiikirizya: bona, eidoboozi ne liva mu kireri, nga likoba nti Ono niiye Mwana wange gwe ntaka, gwe nsanyukira einu; mumuwulire. 6Abayigirizwa bwe baaliwuliire, ne bagwa nga beefundikire, ne batya inu. 7Yesu n'aiza n'abakwataku n'akoba nti Muyimuke, temutya. 8Ne bayimusia amaiso gaabwe, ne batabona muntu, wabula Yesu yenka.9Bwe babbaire nga baika ku lusozi, Yesu n'abalagira ng'akoba nti Temukoberaku muntu bye mwoleseibwe, okutuusya Omwana w'omuntu bw'alimala okuzuukira mu bafu. 10Abayigirizwa be ne bamubuulya, ne bakoba nti Kale kiki ekibakobesya Abawandiiki nti Eriya kimugwaniire okusooka okwiza?11N'airamu n'akoba nti Eriya aiza dala, alirongoosya byonabyona: 12naye mbakoba nti Eriya amalire okwiza, boona tebaamumanyire, naye baamukolere bwe batakire. Atyo n'Omwana w'omuntu alibonyaabonyezebwa ibo. 13Awo abayigirizwa ne bategeera nti yatumwire nabo ku Yokaana Omubatiza.14Bwe baatuukire eri ekibiina, omuntu n'aiza gy'ali, n'amufukaamirira, ng'akoba nti 15Mukama wange, musaasire omwana wange: kubanga agwa ensimbu, gimubonyaabonya inu: kubanga emirundi mingi ng'agwa mu musyo, era emirundi mingi mu maizi. 16Ne muleetera abayigirizwa bo, ne batasobola kumuwonya.17Yesu n'airamu n'akoba nti Imwe ab'emirembe egitaikirirya emikyamu, ndituukya waina okubba naimwe? ndituukya waina okubagumiinkiriza? mumundeetere wano. 18Yesu n'amubogolera; dayimooni n'amuvaaku: omulenzi n'awona okuva mu kiseera ekyo.19Awo abayigirizwa ne baiza eri Yesu kyama, ne bakoba nti Kiki ekitulobeire ife okusobola okumubbinga? 20N'abakoba nti Olw'okwikirirya kwanyu okubba okutono: kubanga dala mbakoba nti Singa mulina okwikirirya okwekankana ng'akaweke ka kalidaali, bwe mulikoba olusozi luno nti Vaawo wano yaba wadi; kale lulyaba; so singa wabula kigambo kye mutasobola. 21Naye kyoka eky'engeri eno tekisobola kuvaawo awabula kusaba no kusiiba.22Bwe babbaire nga bakaali batyaime e Galiraaya, Yesu n'abakoba nti Omwana w'omuntu ayaba kuweebwayo mu mikono gy'abantu; 23balimwita, no ku lunaku olw'okusatu alizuukizibwa. Ne banakuwala inu.24Bwe baatuukire e Kaperunawumu, abantu abasoloozia ediderakima ne baiza eri Peetero, ne bakoba nti Omukama wanyu tawa diderakima? 25N'akoba nti Awa. Bwe yayingiire mu nyumba, Yesu n'amwesooka ng'akoba nti Olowooza otya, Simooni? Bakabaka b'ensi bawoozia oba basoloozia bantu ki? baana baabwe oba banaigwanga?26N'akoba nti Banaigwanga. Yesu n'amukoba nti Kale abaana b'eidembe. 27Naye, tuleke okubesitazya, yaba ku nyanza, osuule eirobo, oinyulule ekyenyanza ekyasooka okwibbulukuka; bwewayasamya omunwa gwakyo, wabonamu esutateri: otwale eyo, ogibawe ku bwange ne ku bubwo.
1Mu kiseera ekyo abayigirizwa ne baiza eri Yesu, ne bakoba nti Kale yani omukulu mu bwakabaka obw'omu igulu? 2N'ayeta omwana omutomuto, n'amwemererya wakati waabwe, 3n'akoba nti Mazima mbakoba nti Bwe mutakyuka okufuuka ng'abaana abatobato, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu igulu.4Kale buli eyeewombeeka ng'omwana ono omutomuto, niiye mukulu mu bwakabaka obw'omu igulu. 5Na buli alisemberya omwana omutomuto ng'ono mu liina lyange ng'asembeirye niinze: 6naye alyesitalya ku abo abatobato bano abanjikirirya waakiri asibibwe mu ikoti olubengo olunene, Kaisi bamusuule mu buliba bw'enyanza.7Girisanga ensi olw'ebigambo ebyesitalya! Kubanga ebisitalya tebirireka kwiza; naye zirisanga omuntu oyo aleeta ekyesitalya! 8Oba ng'omukono gwo oba kugulu kwo nga kukwesitalya, kutemeku okusuule wala: niikyo ekisa oyingire mu bulamu ng'obulaku omukono oba kugulu, okusinga okusuulibwa mu musyo ogw'emirembe n'emirembe, ng'olina emikono gyombiri oba amagulu gombiri.9Era oba ng'eriiso lyo nga likwesitalya, litoolemu, olisuule wala: niikyo ekisa oyingire mu bulamu ng'oli we itulu okusinga okusuulibwa mu Geyeena ey'omusyo, ng'olina amaiso gombiri.10Mubone nga temunyoomanga omumu ku abo abatobato bano; kubanga mbakoba nti mu igulu bamalayika baabwe balingirira enaku gyonagyona amaaio ga itawange ali mu igulu. 11Kubanga Omwana w'omuntu yaizire okulokola ekyagotere.12Mulowooza mutya? Omuntu bw'abba n'entama gye ikikumi, eimu ku egyo bwegota, taleka gidi ekyenda mu omwenda, n’ayaba ku nsozi, n’asagira eyo egotereku? 13Era bw'abba ng'agiboine, mazima mbakoba nti agisanyukira eyo okusinga zidi ekyenda mu mwenda egitagotere. 14Kityo tekitakibwa mu maiso ga Itawanyu ali mu igulu, omumu ku abo abatobato bano okuzikirira.15Omugande wo bw'akukola okubbiibi yaba omubuulirire iwe naye mwenka: bw'akuwulira ng'ofunire mugande wo. 16Naye bw'atawulira, twala ogondi naiwe oba babiri era mu munwa gw'abajulizi ababiri oba basatu buli kigambo kikakate.17Era bw'agaana okuwulira abo kobera ekanisa: era bw'agaana okuwulira n'ekanisa, abbe gy'oli nga munaiwanga era omuwooza.18Mazima mbagamba nti byonabyona bye mulisiba ku nsi birisibibwa mu igulu: era byonabyona bye mulisuwundula ku nsi birisuwundulwa mu igulu. 19Ate mbakoba nti Oba bananyu babiri bwe beetabanga ku nsi buli kigambo kyonakyona kye balisaba, kiribakolerwa itawange ali mu igulu. 20Kubanga we babba ababiri oba basatu nga bakuŋaane mu liina lyange, nzeena ndi awo wakati waabwe.21Awo Peetero n'aiza, n'amukoba nti Mukama wange, mugande wange bw'anyonoonanga, naamusonyiwanga emirundi imeka? kutuukya emirundi musanvu? 22Yesu n'amukoba nti Tinkukoba nti Okutuukya emirundi musanvu; naye nti Okutuukya emirundi ensanvu emirundi omusanvu.23Obwakabaka obw'omu igulu kyebuva bufaananyizibwa n'omuntu eyabbaire kabaka, eyatakire okubona omuwendo n'abaidu be. 24Bwe yasookere okubona, ne bamuleetera omumu, gw'abanja etalanta omutwalo. 25Naye kubanga teyabbaire ne kyo kusasula, mukama we n'alagira okumutunda, no mukali we, n'abaana be, n'ebintu byonabyona by'ali nabyo, eibanja liwe26Awo omwidu n'agwa wansi n'amusinza, ng'akoba nti Mukama wange, manja mpola, nzeena ndikusasula byonabyona. 27Mukama w'omwidu oyo n'amusaasira, n'amulekula, n'amusonyiwa eibbanja.28Naye omwidu oyo n'afuluma, n'asanga mwidu mwinaye, gwe yabbaire abanja edinaali ekikumi: n'amukwata, n'amugwa mu ikoti, ng'akoba nti Sasula eibbanja lyange. 29Awo mwidu mwinaye n'agwa wansi n'amwegayirira, ng'akoba, nti Manja mpola, nzeena ndikusasula.30N'ataikirirya: naye n'ayaba n'amuteeka mu ikomera, amale okusasula eibbanja. 31Awo baidu bainaye bwe baboine bwe bibbaire, ne banakuwala inu, ne baaba ne bakobera mukama waabwe ebigambo byonabyona ebibbaireyo.32Awo mukama we n'amweta n'amukoba nti iwe omwidu omubbiibi, nakusonyiwire eibbanja lidi lyonalyona, kubanga waneegayiriire: 33weena tekikugwaniire kusaasira mwidu mwinawo, nga nze bwe nakusaasiire iwe?34Mukama we n'asunguwala, n'amuwa mu bambowa, amale okusasula eibbanja lyonalyona. 35Atyo Itawange ali mu igulu bw'alibakola, bwe mutasonyiwa mu myoyo gyanyu buli muntu mugande we.
1Awo olwatuukire Yesu bwe yamalire ebigambo ebyo, n'ava e Galiraaya, n'aiza ku luyi lwe Buyudaaya eitale wa Yoludaani; 2ebibiina ebinene ne bimusengererya; n'abawonyerya eyo.3Abafalisaayo ne baiza gy'alii, ne bamukema, nga bakoba nti Omuntu asobola okubbinga omukali we okumulanga buli kigambo? 4N'airamu n'akoba nti Temusoma nti oyo eyabakolere olubereberye nga yabakolere omusaiza n'omukai,5n'akoba nti Omuntu kyeyavanga aleka itaaye ne maye, yegata no mukali we; boona bombiri babbanga omubiri gumu? 6obutabba babiri ate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagaitire awamu, omuntu takyawulangamu.7Ne bamukoba nti Kale, Musa ekyamulagiirye ki okumuwa ebbaluwa ey'okwawukana, kaisi amubbinge? 8N'abakoba nti Olw'obukakanyali bw'emyoyo gyanyu Musa kyeyaviire akirirya mubbingenga abakaali banyu: naye okuva ku luberyeberye tekyabbaire kityo. 9Era mbagamba nti Buli eyabbnganga omukazl we, wabula okumulanga ogw'obwenzi, n'akwa ogondi, ng'ayendere: n'oyo akwa eyabbingire ng'ayendere.10Abayigirizwa ne bamukoba nti Ebigambo eby'omusaiza no mukali we bwe bibba bityo, ti kisa okukwa. 11N'abakoba nti Abantu bonabona tebasobola kwikirirya kigambo ekyo, wabula abakiweweibwe. 12Kubanga waliwo abalaawe abazaaliibwe batyo okuva mu bida bua byabamawabwe; waliwo n'abalaawe abalaayiibwe abantu: waliwo n'abalaawe, abeerawire bonka olw'obwakabaka obw'omu igulu: Asobola okwikkirirya, akikirirye.13Awo ne bamuleetera abaana abatobato, abateekeku emikono gye, asabe: abayigirizwa ne babajunga. 14Naye Yesu n'akoba nti Mubaleke abaana abatobato, temubagaana kwiza gye ndi: kubanga abali ng’abo obwakabaka obw'omu igulu niibwo bwabwe. 15N'abateekaku emikono n'avaayo.16Bona, omuntu n'aiza gy'ali n'akoba nti Mukama wange, ndikola kigambo ki ekisa, mbe n'obulamu obutawaawo? 17N'amugamba nti Lwaki onjeta omusa? Omulungi ali Omu: naye bw'otaka okuyingira mu bulamu, wuliranga amateeka.18N'amukoba nti Galiwaina? Yesu n'akoba nti Toitanga, Toyendanga, Toibbanga, Towaamiriryanga, 19Oteekangamu ekitiibwa itaawo no mawo: era, Yagalanga muliraanwa wo nga bwe wetaka wenka.20Omulenzi n'amukoba nti Ebyo byonabyona nabikwaite: ekimpeewuukireku ki ate? 21Yesu n'amukoba nti Bw'otaka okubba eyatuukiriire, yaba otunde ebibyo, ogabire abaavu, olibba n'obugaiga mu igulu: kaisi oize, onsengererye. 22Omulenzi bwe yawuliire ekigambo ekyo, n'ayaba ng'anakuwaire: kubanga yali alina obugaiga bungi.23Yesu n'akoba abayigirizwa be nti Mazima mbakoba nti Kizibu omuntu omugaiga okuyingira mu bwakabaka obw'omu igulu. 24Era ate mbakoba nti Kyangu eŋamira okubita mu nyindo y'empisyo, okusinga omugaiga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.25Abayigirizwa bwe baawuliire ne beewuunya inu, nga bakoba nti Kale yani asobola okulokolebwa? 26Yesu n'abalingirira n'abakoba nti Mu bantu ekyo tekisoboka; naye Katonda asobola byonabyona. 27Awo Peetero n'airamu n'amukoba nti Bona, ife twalekere byonabyona, ne tukusengererya; kale tulibba na ki?28Yesu n'abakoba nti Mazima mbakoba nti Imwe abansengererya, mu mazaalibwa ag'okubiri Omwana w'omuntu bw'alityama ku ntebe ey'ekitiibwa kye, mweena mulityama ku ntebe eikumi n'eibiri, nga musalira omusango ebika eikumi n'ebibiri ebya Isiraeri.29Na buli muntu yenayena eyalekere enyumba, oba bo luganda, oba bainyina, oba itaaye, oba inyina, oba baana, oba byalo, olw'eriina lyange, aliweebwa emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutawaawo. 30Naye bangi ab'oluberyeberye abaliba ab’oluvanyuma; n'ab'oluvanyuma abalibba ab'oluberyeberye.
1Kubanga obwakabaka obw'omu igulu bufaanana omuntu alina ennyumba ye, eyawine amakeeri okupakasya abalimi balime mu lusuku lwe olw'emizabbibu. 2Bwe yamalire okulagaana n'abalimi eddinaali ey'olunaku olumu, n'abasindika mu lusuku lwe olw'emizabbibu.3N'afuluma esaawa nga giri isatu, n'abona abandi nga bemereire mu katale nga babulaku kye bakola; 4boona n'abakoba nti Mweena mwabe mu lusuku olw'emizabbibu, nzeena naabawa ekyatuuka. Ne baaba.5N'afuluma ate esaawa nga giri mukaaga, era n'omwenda, n'akola atyo. 6N'afuluma esaawa nga giri ikumi n'aimu, n'asanga abandi nga bemereire; n'abakoba nti Kiki ekibemereirye wano obwire okuziba nga mubulaku kye mukola? 7Ne bamugamba nti Kubanga wabula muntu eyatupakasirye. N'abakoba nti Mweena mwabe mu lusuku olw'emizabbibu.8Obwire bwe bwawungeire, omwami w'olusuku olw'emizabbibu n'akoba omukolya we nti Beete abalimi, obawe empeera, osookere ku b'oluvanyuma, okutuusya ku b'oluberyeberye. 9N'ab'omu saawa eikumi n'eimu bwe baizire, ne baweebwa buli muntu edinaali imu. 10Boona abaasookere bwe baizire, ne balowooza nti baweebwa okusingawo; naye boona ne baweebwa buli muntu edinaali imu.11Bwe baagiweweibwe, ne beemulugunyirya omwami. 12nga bagamba nti Bano ab'oluvannyuma bakoleire esaawa imu, n'obekankanya naife, abaateganire amakeeri n'eisana nga litwokya.13Yeena n'aidamu n'akoba omumu ku abo nti Munange, tikunkolere kubbiibi: tewalagaine nanze edinaali imu? 14Twala eyiyo, oyabe; ntaka okuwa ono ow'oluvanyuma nga iwe.15Tinsobola kukola byange nga bwe ntaka? oba eriiso lyo ibbiibi kubanga nze ndi musa? 16Batyo ab'oluvannyuma balibba ab'oluberyeberye, n'ab'oluberyeberye balibba ab'oluvanyuma.17Yesu bwe yabbaire ng'ayambuka okwaba e Yerusaalemi, n'atwala abayigirizwa eikumi n'ababiri kyama, n'abakobera mu ngira nti 18Bona, twambuka twaba e Yerusaalemi; n'Omwana w'omuntu aliweebwayo mu bakabona abakulu n'abawandiiki; boona balimusalira omusango okumwita, 19era balimuwaayo mu b'amawanga okumuduulira, n'okumukubba, n'okumukomerera: kaisi n'azuukizibwa ku lunaku olw'okusatu.20Awo maye w'abaana ba Zebbedaayo n'aiza gy'ali, n'abaana be, n'amusinza, n'amusaba ekigambo. 21N'amukoba nti Otaka ki? N'amukoba nti Lagira abaana bange bano bombiri batyame, omumu ku mukono gwo omuliiro, n'ogondi ku mukono gwo omugooda, mu bwakabaka bwo.22Naye Yesu n'airamu n'akoba nti Temumaite kye musaba. Muyinza okunywa ku kikompe nze kye njaba okunywaku? Ne bamukoba nti Tusobola. 23N'abakoba nti Ku kikompe kyange mulinywiraku dala: naye okutyama ku mukono gwange omuliiro, no ku mukono omugooda, ti niinze nkugaba, wabula eri abo Itawange be yakugisiire. 24Na badi eikumi bwe baawuliire, ne banyiigira ab'oluganda ababiri.25Naye Yesu n'abeeta gy'ali, n'akoba nti Mumaite ng'abaami b'amawanga babafuga, n'abakulu baabwe babatwala n'amaani. 26Tekiibbenga kityo mu imwe: naye buli ataka okubba omukulu mu imwe yabbanga muweereza wanyu: 27na buli ataka okubba ow'oluberyeberye mu imwe yabbanga mwidu wanyu: 28nga Omwana w'omuntu bw'ataizire kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe ekinunulo eky'abangi.29Bwe babbaire nga bafuluma mu Yeriko, ekibiina ekinene ne kimusengererya. 30Bona, abazibe b'amaaso babiri ababbaire batyaime ku mbali kw'engira, bwe baawuliire nti Yesu abitawo, ne batumulira waigulu; nga bakoba nti Mukama waisu, tusaasire, omwana wa Dawudi. 31Ekibiina ne kibabogolera, okusirika: naye ibo ne beeyongera okutumulira waigulu, nga bakoba nti Mukama waisu, tusaasire, omwana wa Dawudi.32Yesu n'ayemerera, n'abeeta, n'akoba nti Mutaka mbakole ki? 33Ne bamukoba nti Mukama waffe, amaiso gaisu gazibuke. 34Yesu n'akwatibwa ekisa, n'akwata ku maiso gaabwe: amangu ago ne babona, ne bamugobereerya.
1Bwe baasembeire okumpi ne Yerusaalemi, ne batuuka e Besufaage, ku lusozi olwa Zeyituuni awo Yesu n'atuma abayigirizwa babiri, 2n'abakoba nti Mwabe mu mbuga ebali mu maiso, amangu ago mwabona endogoyi ng'esibiibwe, n'omwana gwayo yoona; mugisuwundule, mugindeetere. 3Naye omumu bweyabakoba ekigambo, mwakoba nti Mukama waisu niiye agitaka; yeena yagiweererya mangu ago.4Kino ky'abbaire, ekigambo kituukirire nabbi kye yatumwire, ng'akoba nti 5Mukobere muwala wa Sayuuni nti Bona, Kabaka wo aiza gy'oli. Omuteefu, nga yeebagaire endogoyi, N'akayana omwana gw'endogoyi.6Abayigirizwa ne baaba, ne bakola nga Yesu bwe yabalagiire 7ne baleeta endogoyi, n'omwana gwayo, ne bagiteekaku engoye gyabwe; n'agityamaku. 8Abantu bangi ab'omu kibiina ne baalirira engoye gyabwe mu ngira; abandi ne batema amatabi ku misaale, ne bagaaliira mu ngira.9Ebibiina ebyamutangiire, n'ebyo ebyaviire enyuma ne bitumulira waigulu, ne bikoba nti Ozaana eri omwana wa Dawudi: Aweweibwe omukisa aiza mu liina lya Mukama: Ozaana waigulu mu igulu. 10Awo bwe yayingiire mu Yerusaalemi, ekibuga kyonakyona ne kikankanyizibwa nga kikoba nti Yani ono? 11Ebibiina ne bikoba nti Ono nabbi, Yesu ava mu Nazaaleesi eky'e Galiraaya.12Yesu n'ayingira mu yeekaalu ya Katonda, n'abbingira ewanza bonabona ababbaire batundira mu yeekaalu. n'avuunika embaawo egyabadi abawaanyisya efeeza, n'entebe ez'abadi batunda amayemba; 13n'abakoba nti Kyawandiikiibwe nti Enyumba yange yayetebwanga nyumba yo kusabirangamu: naye imwe mugifiire mpuku ya banyagi. 14Awo abazibe b'amaiso n'abaleme ne baiza gy'ali mu yeekaalu: n'abawonya.15Naye bakabona abakulu n'abawandiiki bwe baboine eby'amagero bye yakolere, n'abaana abatumuliire waigulu mu yeekaalu nga bakoba nti Ozaana eri omwana wa Dawudi; ne banyiiga 16ne bamukoba nti Owulira bano bwe bakoba? Yesu n'abagamba nti Mpulira: temusomangaku nti Mu munwa gw'abaana abatobato n'abawere otukirirya eitendo? 17N'abaleka, n'afuluma mu kibuga, n'ayaba e Bessaniya, n'agona eyo.18Awo amakeeri bwe yabbaire ng'airayo ku kibuga, enjala n'emuluma. 19N'abona omusaale gumu ku mbali kw'engira, n'agutuukaku, n'asanga nga kubula kintu, wabula amakoola ameereere; n'agukoba nti Tobalanga bibala emirembe n'emirembe. Amangu ago omusaale ne guwotoka.20Abayigirizwa bwe baboine, ne beewuunya, ne bakoba nti Omutiini guwotokere gutya amangu? 21Yesu n'airamu n'abakoba nti Mazima mbakoba nti Bwe mwabbanga n'okwikirirya, nga temubuusabuusa, temwakolenga kino kyonka eky'omutiini, naye bwe mulikoba olusozi luno nti Situlibwa osuulibwe mu nyanza, kirikolebwa. 22Ne byonabyona bye mwatakanga nga musaba, nga mwikiriirye, mwabiweebwanga.23N'ayingira mu yeekaalu, bakabona abakulu n'abakaire b'abantu ne baiza gy'ali ng'ayegeresya, ne bakoba nti Buyinza ki obukukozesya bino? yani eyakuwaire obuyinza buno? 24Yesu n'airamu n'abakoba nti Nzeena ka mbabuulye ekigambo kimu, bwe mwakingiramu, era nzeena n'abakobera obuyinza bwe buli obunkozesya bino.25Okubatiza kwa Yokaana kwaviire waina? mu igulu oba mu bantu? Ne beebuulyagana bonka na bonka, ne bakoba nti Bwe twakoba nti Mu igulu: yatukoba nti Kale kiki ekyabalobeire okumwikirirya? 26Naye bwe twakoba nti Mu bantu; tutya abantu; kubanga bonabona bamulowooza Yokaana nga nabbi. 27Ne bairamu Yesu ne bamukoba nti Tetumaite. Yeena n'abakoba nti Era nzeena tiimbakobere obuyinza bwe buli obunkozesya bino.28Naye mulowooza mutya? Waaliwo omuntu eyabbaire abaana be babiri; n’aiza eri ow'oluberyeberye, n'akoba nti Omwana, yaba okole emirimu Atyanu mu lusuku olw'emizabbibu. 29N'airamu n'akoba nti ngaine: naye oluvanyuma ne yeenenya, n'ayaba. 30N'aiza eri ow'okubiri, n'amukoba atyo. Yeena n'airamu n'akoba nti Ka njabe, sebo: n'atayaba.31Ku abo bombiri yani eyakolere itaaye ky'ataka? Ne bakoba nti Ow'oluberyeberye. Yesu n'abakoba nti Mazima mbakoba nti abawooza n'abenzi babasooka imwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda. 32Kubanga Yokaana yaizire gye muli mu ngira ey'obutuukirivu, mweena temwamwikirirye: naye abawooza n'abenzi baamwikiriirye: mweena, bwe mwaboine mutyo, n'oluvanyuma temwenenyerye okumwikirirya.33Muwulire olugero olundi: Waaliwo omuntu eyabbaire n'enyumba ye, n'asimba olusuku olw'emizabbibu, n'alukomeraku olukomera, n'alusimamu eisogolero, n'azimba ekigo, n'alusigira abalimi, n'atambula olugendo. 34Awo omwaka bwe gwabbaire guli kumpi okutuuka ebibala okwenga, n'atuma abaidu be eri abalimi, babawe ebibala bye.35Naye abalimi ne bakwata abaidu be, omumu ne bamukubba, ogondi ne bamwita, ogondi ne bamukasuukirira Amabbaale. 36N'atuma ate abaidu abandi bangi okusinga ab'oluberyeberye: ne babakola boona batyo. 37Oluvanyuma n'abatumira omwana we, ng'akoba nti Bawulira omwana wange.38Naye abalimi bwe baboine omwana ne bakoba bonka na bonka nti Ono niiye omusika; mwize, tumwite, tulye obusika bwe. 39Ne bamukwata, ne bamusindiikirirya mu lusuku lw’emizabibbu, ne bamwita.40Kale, mukama w'olusuku olw'emizabbibu bw'aliiza, alibakola atya abalimi abo? 41Ne bamukoba nti Abo ababbiibi alibazikirirya kubbiibi; naye olusuku olw'emizabbibu alirusigira abalimi abandi, abamuweerezanga ebibala byamu mu mwaka gwabyo.42Kale, mukama w'olusuku olw'emizabbibu bw'aliiza, alibakola atya abalimi abo?43Kyenva mbagamba nti Obwakabaka bwa Katonda bulibatoolebwaku imwe, buliweebwa eigwanga eribala ebibala byabwo. 44Era agwa ku ibbaale lino alimenyekamenyeka: n'oyo gwe lirigwaku, lirimubbetenta.45Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo bwe baawuliire engero gye, ne bategeera nti atumwire ku ibo. 46Nabo bwe babbaire bataka okumukwata, ne batya ebibiina, kubanga byamulowoozere okubba nabbi.
1Yesu n'airamu n'atumula nabo ate mu ngero, ng'akoba nti 2Obwakabaka obw'omu igulu bufaananyizibwa omuntu eyabbaire kabaka, eyamufumbiire omwana we embaga ey'obugole, 3n'atuma abaidu be okweta abaayeteirwe embaga ey'obugole: ne batataka kwiza.4N'atuma ate abaidu abandi, ng'akoba nti Mukobere abantu abaayetebwe nti Bona, nfumbire embaga yange; ente gyange n'eza sava gitiitiibwe, ne byonabyona byeteekereteekere: mwize ku mbaga ey'obugole.5Naye ibo ne batateekayo mwoyo ne baaba, ogondi mu kyalo kye, ogondi mu buguli bwe: 6abaasigairewo ne bakwata abaidu be, ne babakolera ekyeju, ne babaita. 7Kabaka n'akwatibwa obusungu; n'agaba eigye lye, n'azikirirya abaiti abo, n'ayokya ekibuga kyabwe.8Awo n'agamba abaidu be nti Obugole bweteekereteekere, naye abo abaayitiibwe tebasaaniire. 9Kale mwabe mu masaŋangira g'enguudo, bonabona be mwabonayo mubeete ku mbaga ey'obugole: 10Abaidu badi ne baaba mu nguudo, ne bakuŋaanya bonabona be baboine, ababbiibi n'abasa: obugole ne bwizula abageni.11Naye kabaka bwe yayingiire okulaba abageni, n'abonamu omuntu atavaire kivaalo kyo bugole: 12n'amukoba nti Munange, oyingiire otya wano nga obula kivaalo kyobugole? n'abunira.13Awo kabaka n'akoba abaweereza be nti Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule mu ndikirirya eky'ewanza; niimwo mulibba okukunga n'okuluma ensaya. 14Kubanga bangi abayeteibwe, naye abalondemu batono.15Awo Abafalisaayo ne baaba, ne bateesya wamu bwe bamutega mu bigambo. 16Ne bamutumira abayigirizwa baabwe, wamu n'Abakerodiyaani, ne bakoba nti Omwegeresya, tumaite ng'oli wa mazima, era ng'oyegeresya mu mazima engira ya Katonda, so ebigambo by'omuntu yenayena tobiteekaku mwoyo: kubanga tososola mu bantu. 17Kale tukobere, olowooza otya? Kisa okuwa Kayisaali omusolo, oba ti niiwo awo?18Naye Yesu n'ategeera Obubbiibi bwabwe, n'akoa nti Munkemera ki, imwe bannanfuusi? 19Mundage efeeza ey'omusolo. Ne bamuleetera edinaali.20N'abakoba nti Ekifaananyi kino n'obuwandiikeku by'ani? 21Ne bamukoba nti Bya Kayisaali. Awo n'abakoba nti Kale musasule Kayisaali ebya Kayisaali; no Katonda ebya Katonda. 22Bwe baawuliire, ne beewuunya, ne bamuleka, ne baaba.23Ku lunaku olwo ne baiza gy'ali Abasadukaayo, abakoba nti wabula kuzuukira: ne bamubuulya, 24nga bakoba nti Omwegeresya, Musa yakobere nti Omuntu bw'afanga, nga abula baana, omugande airengawo akwe omukali we, azaalire omugande eizaire.25Awo ewaisu yabbaireyo ab'oluganda musanvu: ow'oluberyeberye n'akwa n'afa, naye nga bw'abula eizaire n'alekera omugande omukali we; 26atyo n'ow'okubiri, n'ow'okusatu, okutuusya bonabona omusanvu. 27Oluvanyuma, bonabona nga baweirewo, omukali n'afa. 28Kale mu kuzuukira alibba mukali waani ku abo omusanvu? kubanga bonabona baabunire okumukwa.29Naye Yesu n'airamu n'abakoba nti Mukyama olw'obutamanya ebyawandiikiibwe, waire amaani ga Katonda. 30Kubanga mu kuzuukira tebakwa, so tebafumbirwa, naye bali oti bamalayika mu igulu.31Naye eby'okuzuukira kw'abafu, temwasomere Katonda kye yabakobere nti 32Nze ndi Katonda wa Ibulaimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo? Si Katonda wa bafu, naye wa balamu. 33Ebibiina bwe byawuliire ne byewuunya okwegeresya kwe.34Naye Abafalisaayo bwe baawuliire nti asirikirye Abasadukaayo, ne bakuŋaanira wamu. 35Omumu ku ibo, ow'amateeka, n'amubuulya ng'amukema nti 36Omwegeresya ekiragiro ekikulu mu mateeka kiruwa?37Naye n'amukoba nti Takanga Mukama Katonda wo n'omwoyo gwo gwonagwona, n'obulamu bwo bwonabwona, n'amagezi go gonagona. 38Kino niikyo kiragiro ekikulu eky'oluberyeberye.39N'eky'okubiri ekikifaanana niikyo kino nti Takanga muliraanwa wo nga bwe wetakala wetaka. 40Mu biragiro bino byombiri amateeka gonagona mwe gasinziira, era na banabbi.41Abafalisaayo bwe baakuŋaanire, Yesu n'ababuulya, 42ng'agamba nti Kristo mumulowooza mutya? niiye mwana w'ani? Ne bamukoba nti Wa Dawudi.43N'abakoba nti Kale, Dawudi mu Mwoyo kiki ekimwetesya Mukama we, ng'akoba nti 44Mukama yakobere Mukama wange nti Tyama ku mukono gwange omuliiro, Okutuusya lwe nditeeka abalabe bo wansi w'ebigere byo?45Kale oba nga Dawudi amweta Mukama we, ali atya omwana we? 46Ne watabba muntu eyasoboire okumwiramu ekigambo, era okuva ku lunaku olwo tewabbaire muntu eyasoboire okumubuulya ekigambo ate.
1Awo Yesu n'ayogera n'ebibiina n'abayigirizwa be, 2ng'akoba nti Abawandiiki n'Abafalisaayo batyaime ku ntebe ya Musa: 3kale ebigambo byonabyona bye babakoba, mubikole mubikwate: naye temukola nga ibo bwe bakola; kubanga boogera naye tebakola.4Era basiba emigugu egizitowa egiteetikkika, bagitika abantu ku kibebega; naye ibo beene tebataka kugisisiikya n'engalo yaabwe. 5Naye ebikolwa byabwe byonabyona babikola era abantu babibone, kubanga bagaziya fulakuteri gyabwe, era bongeraku amatanvuwa,6era bataka ebifo eby'omu maiso ku mbaga, n'entebe egy'ekitiibwa mu makuŋaaniro, 7n'okusugiribwa mu butale, n'okuyitibwa abantu nti Labbi.8Naye imwe temwetebwanga Labbi: kubanga, Omwegeresya wanyu ali omumu, mweena mwenna muli bo luganda. 9Era temwetanga muntu ku nsi itawanyu: kubanga Kitawanyu ali mumu, ali mu igulu. 10So temwetebwanga balagirizi: kubanga omulagirizi wanyu ali mumu, niiye Kristo.11Naye mu imwe abasinga obukulu yabbanga muweereza wanyu. 12Na buli eyegulumizyanga yaikakanyizibwanga; na buli eyeikakanyanga yagulumizibwanga.13Naye giribasanga imwe, Abawandiiki n'Abafalisaayo, bannanfuusi kubanga mugalira obwakabaka obw'omu gulu mu maiso g'abantu; kubanga imwe temuyingira, n'abo ababba bayingira temubaganya kuyingira. 14Giribasanga mwe, Abawandiiki n'Abafalisaayo, bananfuusi Kubanga mulya enyumba gya banamwandu, era ne mwefuula abasaba einu: n'olwekyo mulibaaku omusango ogusinga obunene. 15Ziribasanga imwe, Abawandiiki n'Abafalisaayo, bananfuusi kubanga mwetooloola mu nyanza no ku itale okukyusa omuntu omumu naye bw'aboneka, mumufuula mwana we Geyeena emirundi ibiri okusinga imwe.16Giribasanga mwe, abasaale abazibe b'amaiso, abakoba nti Buli anaalayiranga yeekaalu, nga ti kintu; naye buli eyalayiranga ezaabu ey'omu yeekaalu, ng'akolere omusango. 17Imwe abasiru era abazibe b'amaiso; kubanga ekikira obukulu kiruwa, ezaabu, oba yeekaalu etukuza ezaabu?18Oba mugamba nti Omuntu bweyalayiranga ekyoto, nga ti kintu; naye buli eyalayiranga ekitone ekiriku, ng'akolere omusango. 19Imwe abazibe b'amaiso: kubanga ekisinga obukulu kiruwa, ekitone, oba ekyoto ekitukuzya ekitone?20Naye alayira ekyoto, alayira ikyo, ne byonabyona ebiriku. 21Naye alayira yeekaalu alayira iyo, n'oyo atyama omwo. 22Naye alayira eigulu, alayira ntebe ya Katonda, n'oyo agityamaku.23Giribasanga imwe, Abawandiiki n'Abafalisaayo, bananfuusi! kubanga muwa ekitundu eky'eikumi ekya nabugira no aneta no kumino, ne mulekayo ebigambo ebikulu eby'amateeka, obutalyanga nsonga, n'ekisa, n'okwikirizanga: naye bino byabagwaniire okubikola, era ne bidi obutabirekayo. 24Imwe abasaale abazibe b'amaiso abasengeja ensiri, ne mumira eŋamira.25Giribasanga imwe, Abawandiiki n'Abafalisaayo, bananfuusi! kubanga munaabua kungulu ku kikompe n'ekibya, naye mukati mwizwire obunyagi n'obuteegenderezya. 26Iwe Omufalisaayo omuzibe w'amaiso, sooka onabye mukati mu kikompe n’ekibya, no kungulu kwakyo kaisi kubbe kusa27Giribasanga imwe, Abawandiiki n'Abafalisaayo, bananfuusi kubanga mufaanana amalaalo agasiigibwa okutukula, agaboneka kungulu nga gawoomere, naye mukati mwizwire amagumba g'abafu, n'empitambibbi yonayona. 28Mutyo mweena kungulu muboneka mu bantu nga muli batuukirivu, naye mukati mwizwire obunanfuusi n'obujeemu.29Giribasanga imwe, Abawandiiki n'Abafalisaayo, bananfuusi! kubanga muzimba amalaalo ga banabbi, muwoomya ebigya by'abatuukirvu, 30ne mukoba nti Singa twabbairewo mu biseera bya Bazeiza baisu tetwandikiriirye kimu nabo mu musaayi gwa banabbi. 31Mutyo mwetegeezya mwenka nti muli baana baabwe abaita banabbi.32Kale mwizulye ekigera kya Bazeiza. 33Imwe emisota, abaana b'embalasaasa, muliruka mutya omusango ogwa Geyeena?34Bona, kyenva mbatumira banabbi, n'ab'amagezi, n'abawandiiki: n'abamu ku ibo mulibaita mulibakomerera; n'abandi mulibakubba emiigo mu makuŋaaniro ganyu mulibayiganya mu byalo byonabyona: 35kaisi mwizirwe omusaayi gwonagwona omutuukirivu ogwayiikire ku nsi, okusookera ku musaayi gwa Abiri oyo omutuukirivu okutuusya ku musaayi gwa Zaakaliya omwana wa Balakiya, gwe mwaitiire wakati we yeekaalu n'ekyoto. 36Mazima mbakoba nti Ebigambo bino byonabyona birituukirira ab'emirembe gino.37Yerusaalemi, Yerusaalemi, aita banabbi, akasuukirira amabbaale abantu abatumibwa gy'ali! emirundi imeka gye natakiire dala okukuŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋaanya obwana bwayo mukati w'ebiwawa byayo, ne mutataka! 38Bona, enyumba yanyu ebalekeirwe kifulukwa. 39Kubanga mbakoba nti Temulimbonaku n'akatono okusooka Atyanu, okutuusia lwe mulitumula nti Aweweibwe omukisa aiza mu liina lya Mukama.
1Yesu n'afuluma mu yeekaalu; yabbaire ng'atambula, abayigirizwa be ne baiza okumulaga amazimba ga yeekaalu: 2Naye n'airamu n'abakoba nti Temubo bino byonabyona? mazima mbagamba nti Tewalisigala wano ebbaale eriri kungulu ku ibbaale eritalisuulibwa wansi.3Bwe yabbaire atyaime ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa ne baiza gy'ali kyama, ne bakoba nti Tukobere bino we biribbeererawo n'akabonero ak'okwiza kwo bwe kalibba, n'ak'emirembe gino okuwaawo? 4Yesu n'airamu n'abagamba nti Mubone omuntu yenayena tabakyamyanga. 5Kubanga bangi abaliiza mu liina lyange, nga bakoba nti Niinze Kristo; balikyamya bangi.6Muliwulira entalo n'eitutumu ly'entalo: mubone temweraliikiriranga: kubanga tebirirema kubbaawo; naye enkomerero ng'ekaali. 7Kubanga eigwanga liritabaala egwanga no kabaka alitabaala kabaka: walibbaawo enjala n'ebikankanu mu bifo ebitali bimu. 8Naye ebyo byonabyona niilwo luberyeberye lw'okulumwa.9Lwe balibawaayo imwe mubonyebonyezebwe, balibaita: mweena mulikyayibwa amawanga gonagona okubalanga eriina lyange. 10Mu biseera ebyo bangi abalyesitala, baliwaŋanayo, balikyawagana. 11Ne banabbi bangi ab'obubbeyi balijja, balikyamya bangi.12Era kubanga obujeemu buliyinga obungi, okutaka kw'abasinga obungi kuliwola. 13Naye agumiinkiriza okutuuka ku nkomerero, niiye alirokolebwa. 14N'enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi gyonagyona, okubba omujulirwa mu mawanga gonagona; awo enkomerero kaisi neiza.15Kale bwe mulibona eky'omuzizo ekizikiririzia, Danyeri nabbi kye yatumwireku, nga kyemereire mu kifo ekitukuvu, (asomamu ategeere), 16kale abali mu Buyudaaya bairukiranga ku nsozi: 17ali waigulu ku nyumba taikanga kutoolamu bintu ebiri mu nyumba ye: 18ali mu lusuku tairanga ate kutwala kivaalo kye.19Naye giribasanga abali ebida n'abayonkya mu naku egyo! 20Mweena musabe ekiruko kyanyu kireke okubba mu biseera eby'empewo, waire ku sabbiiti: 21kubanga mu biseera ebyo waliba ekibonyoobonyo ekinene, nga tekibbangawo kasookeire ensi ebbaawo okutuusia atyanu, era tekiribbaawo ate. 22Enaku egyo singa tegyasaliibweku, tewandirokokere buli alina omubiri: naye olw'abalonde enaku egyo girisalibwaku.23Mu biseera ebyo omuntu bw'abakobanga nti bona, Kristo ali wano, oba nti Wano; temwikiriryanga. 24Kubanga waliiza bakristo ab'obubbeyi, ne banabbi ab'obubbeyi, boona balikola obubonero obukulu n'eby'amagero; n'okukyamya bakyamye n'abalonde, oba nga kisoboka. 25Bona, mbakobeire.26Kale bwe mbakobanga nti Bona, ali mu idungu; temufulumanga: bona, ali mu bisenge mukati; temwikiriryanga. 27Kubanga ng'okumyansia bwe kuva ebuvaisana, ne kubonekera ebugwaisana; kutyo bwe kulibba okwiza kw'Omwana w'omuntu. 28Awabba omulambo wonawona, awo ensega we gikuŋaanira.29Naye amangu ago, oluvanyuma lw'ekibonyoobonyo eky'omu naku egyo eisana erifuuka endikirirya, n'omwezi tegulyolesia musana gwagwo, n'emunyenye zirigwa okuva mu igulu, n'amaani ag'omu igulu galisiisiikibwa:30awo lwe kaliboneka akabonero ak'Omwana w'omuntu mu igulu: n'ebika byonabyona eby'ensi lwe birikubba ebiwoobe, biribona Omwana w'omuntu ng'aiza ku bireri eby'eigulu n'amaani n'ekitiibwa ekinene. 31Era alituma bamalayika be n'eidoboozi inene ery'eikondeere, boona balikuŋaanya abalonde be mu mpewo eina, okuva ku nkomerero y'eigulu n'okutuusia ku nkomerero yaalyo.32Era mwegere ku mutiini olugero lwagwo: eitabi lyagwo bwe rigeiza, amakoola ne gatojera, mutegeera ng'omwaka guli kumpi; 33mutyo mweena, bwe mulibona ebigambo ebyonabyona, mutegeere nti ali kumpi, ku lwigi.34Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriwaawo, okutuusia ebyo byonabyona lwe birikolebwa. 35Eigulu n'ensi biriwaawo, naye ebigambo byange tebiriweerawo dala.36Naye eby'olunaku ludi n'ekiseera wabula abimaite, waire bamalayika ab'omu igulu, waire Omwana, wabula Itawange yenka.37Naye ng'enaku gya Nuuwa bwe gyabbaire, bwe kutyo bwe kulibba okwiza kw'Omwana w'omuntu. 38Kuba nga bwe babbaire ku naku egyo egyasookere amataba nga balya nga banywa, nga bakwa nga babairya, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingiire mu lyato, 39ne batamanya okutuusia amataba lwe gaizire, ne gabatwala bonabona; kutyo bwe kulibba okwiza kw'Omwana w'omuntu.40Mu biseera ebyo abasaiza babiri balibba mu kyalo; omumu alitwalibwa, n'ogondi alirekebwa: 41abakali babiri balibba nga basya ku lubengo; omumu alitwalibwa, n'ogondi alirekebwa. 42Kale mumoge; kubanga temumaite lunaku bwe luli Mukama wanyu lw'aiziraku.43Naye kino mukitegeere nti Alina enyumba ye singa yamaite ekisisimuko bwe kiri omubbiibi ky'eyaziiramu, yanditmogere, teyandirekere nyumba ye kusimibwa. 44Kale mweena mweteeketeeke: kubanga mu kiseera kye mutalowoozeryamu Omwana w'omuntu ky'aiziramu.45Kale aluwa ate omwidu oyo omwesigwa ow'amagezi, mukama we gwe yasigira ab'omu nyumba ye, okubawanga emere yaabwe mu kiseera kyayo? 46Omuddu oyo alina omukisa, mukama we gw'alisanga ng'aizire ngakola atyo. 47Mazima mbakoba nti alimusigira ebintu bye byonabyona.48Naye omwidu oyo omubbiibi bw'alikoba mu mumwoyo gwe nti Mukama wange alwire; 49era bw'alisooka okukubba baidu bainaye, kaisi n'okunywira awamu n'abatamiivu; 50mukama w'omwidu oyo aliizira ku lunaku lw'atalindiririramu, ne mu kiseera ky'atamaite, 51alimutemamu ebitundu bibiri, alimuwa omugabo gwe wamu na bananfuusi: niimwo mulibba okukunga n'okuluma ensaya.
1Mu biseera ebyo obwakabaka obw'omu igulu bulifaananyizibwa abawala eikumi, abaatwaire etabaaza gyabwe, ne baaba okusisinkana eyakwa omugole. 2Naye bainaabwe abataanu babbaire basirusiru, n'abataanu niibo babbaire n'amagezi. 3Kubanga abasirusiru, bwe baatwaire etabaaza zaabwe, ne bateetwalira mafuta: 4naye abalina amagezi ne batwala amafuta mu macupa gyabwe wamu n'etabaaza guabwe.5Naye eyakwa omugole bwe yalwireyo, bonabona ne bawongera ne bagona. 6Naye obwire mu itumbi ne wabba oluyoogaanu nti bona, eyakwa omugole aiza! Mufulume okumusisinkana.7Abawala badi bonabona ne kaisi n'ebagolokoka, ne balongoosya etabaaza gyabwe. 8Abasirusiru ne bakoba abalina amagezi nti Mutuwe ku mafuta gangyu; kubanga etabaaza gyaisu giweerera. 9Naye abaalina amagezi ne bairamu, ne bakoba nti koizi tegaatumale fenafena naimwe: waakiri mwabe eri abatunda, mwegulire.10Bwe babbaire baaba okugula, eyakwa omugole n'aiza: n'abo ababbaire beeteekereteekere ne bayingira naye mu mbaga ey'obugole: olwigi ne lwigalwawo. 11Oluvannyuma abawala badi abandi boona ne baiza, ne bakoba nti Mukama waisu, mukama waisu, twigulirewo. 12Naye n'airamu n'akoba Mazima mbakoba nti timbamaite: 13Kale mumoge, kubanga temumanyi lunaku waire ekiseera.14Kubanga buli ng'omuntu eyabbaire ayaba okutambula mu nsi egendi, n'ayeta abaidu be, n'abalekera ebintu bye. 15N'awa omumu etalanta itaanu, ogondi ibiri, ogondi imu; buli muntu ng'obuyinza bwe bwe bwabbaire; n'ayaba, 16Amangu ago odi eyaweweibwe etalanta eitaanu n'ayaba n'agisuubuzisia n'aviisiamu etalanta itaanu egindi.17Atyo n'odi eyaweweibwe etalanta eibiri n'aviisiamu ibiri egindi. 18Naye odi eyaweweibwe eimu n'ayaba n'asima mu itakali, n'agisa efeeza ya mukama we.19Awo ebiseera bingi bwe byabitire, mukama w'abaidu bali n'ajja, n'abala nabo omuwendo. 20N'odi eyaweeibwe etalanta eitaano n'aiza n'aleeta etalanta itaano egindi, n'akoba nti Mukama wange, wandekeire etalanta itaano: bona, naviisiryemu etalanta itaanu egindi. 21Mukama we n'amukoba nti Weebale, oli muddu musa mwesigwa: wabbaire mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu isanyu lya mukama wo.22N'odi eyaweibwe etalanta eibiri n'aiza n'akoba nti Mukama wange, wandekeire etalanta ibiri: bona, naviisiryemu etalanta ibiri egindi. 23Mukama we n'amukoba nti Weebale, oli mwidu musa mwesigwa; wabbaire mwesigwa mu bitono, ndikusigira ebingi: yingira mu isanyu lya mukama wo.24N'odi eyawewebwe etalanta eimu n'aiza n'akoba nti Mukama wange, nakumanyire ng'oli muntu mukakanyali ng'okungulira gy’otaasigiire, ng'okuŋaanyirya gy’otaayiyiirire: 25ne ntya, ne njaba, ne ngigisa mu itaka etalanta yo: bona, eyiyo oli nayo.26Naye mukama we n'airamu n'amukoba nti Oli mwidu mubbiibi mugayaavu, wamanyire nti nkungulira gye ntasigiire, nkuŋaanyirya gye ntayiiriire; 27kale kyakugwaniire okugiwa abasuubuzi efeeza yange, nzeena bwe nandizire nandiweweibwe eyange n'amagoba gaamu.28Kale mumutooleku etalanta, mugiwe odi alina etalanta eikumi. 29Kubanga buli muntu alina aliweebwa, era alibba na bingi: naye abula, alitoolebwaku na kidi ky'ali nakyo. 30N'omwidu oyo abulaku ky'agasa mumusuule mu ndikirirya ey'ewanza: niimwo mulibba okukunga n'okuluma ensaya.31Naye Omwana w'omuntu bw'aliizira mu kitiibwa kye, na bamalayika bonabona nga bali naye, awo bw'alityama ku ntebe ey'ekitiibwa kye: 32n'amawanga gonagona galikuŋaanyizibwa mu maiso ge; naye alibawulamu ng'omusumba bw'ayawulamu entama n'embuli: 33entama aligiteeka ku mukono gwe omuliiro, naye embuli ku mukono omugooda.34Awo Kabaka alikoba abali ku mukono gwe omuliiro nti Mwize, imwe Itawange be yawaire omukisa, musikire obwakabaka obwabateekeirweteekeirwe okuva ku kutonda ensi: 35kubanga nabbaire njala ne mumpa ekyokulya: nabbaire enyonta ne munywesya: nabbaire mugenyi ne mungonia; 36nabbaire bwereere ne munvaalya: nabbaire mulwairwe ne munambula: nabbaire mu nvuba, ne mwiza mumbona.37Awo abatuukirivu balimwiramu nga bakoba nti Mukama waisu, twakuboine di ng'olina enjala ne tukuliisia? oba ng'olina enyonta ne tukunywisya? 38Era twakuboine di ng'oli mugeni ne tukugonia? oba ng'oli bwereere ne tukuvaalisia? 39Era twakuboine di ng'oli mulwaire, oba mu nvuba, ne twiza tukubona? 40No Kabaka aliramu alibakoba nti Mazima mbakoba nti Nga bwe mwakokere omumu ku abo bagande bange abasinga obutotobuto, mwakikolere ninze.41Awo libakoba boona abali ku mukono gwe omugooda nti Muveewo we ndi, imwe abaakolimiurwe, mwabe mu musyo ogutawaawo ogwateekeirweteekeirwe Setaani na bamalayika be: 42kubanga nabbaire enjala, temwampaire kyokulya: nabbaire enyonta, temwanywisirye: 43nabbaire mugeni, temwangonerye: nabbaire bweeere, temwanvalisirye: mullwaire, no mu nvuba, temwanambwire.44Awo boona baliiramu, nga bakoba nti Mukama waisu, twakuboine di ng'olina enjala, oba ng'olina enyonta, oba mugeni, oba bweeere, oba mulwaire, oba mu nvuba, ne tutakuweererya? 45Awo alibaramu, ng'agamba nti Mazima nbagamba nti Nga bwe mutaakolere omumu ku abo abasinga obutotobuto, temwakikolere niinze. 46Ne bano balyaba mu kibonerezo ekitawaawo; naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutawaawo.
1Awo olwatuukire Yesu bwe yamalire ebigambo ebyo byonabyona, n'akoba abayigirizwa be nti 2Mumaite nti olw'eibiri walibbaawo Okubitaku, n'Omwana w'omuntu aliweebwayo okukomererwa.3Awo bakabona abakulu n'abakaire b'abantu ne bakuŋaanira mu kigango kya kabona asinga obukulu, eyayeteibwe Kayaafa; 4ne bateeseza wamu Yesu okumukwatisya amagezi, bamwite. 5Naye ne bakoba nti Tuleke okumukwatira ku lunaku olukulu, abantu baleke okukaayana.6Naye Yesu bwe yabbaire mu Bessaniya, mu nyumba ya Simooni omugenge, 7omukali n'aiza gy'ali, eyabbaire n'ecupa ey'amafuta ag'omusita ag'omuwendo omungi einu, n'agamufuka ku mutwe, ng'atyaime alya. 8Naye abayigirizwa bwe baboine, ne banyiiga ne bakoba nti Gafiirire ki gano? 9Kubanga gano singa gatundiibwe gandiviiremu ebintu bingi, okuwa abaavu.10Naye Yesu bwe yategeire n'abakoba nti Munakuwalirya ki omukali? kubanga ankolere ekigambo ekisa. 11Kubanga abaavu ibo muli nabo buliijo; naye temuli nanze buliijo.12Kubanga bw'afukire amafuta gano ku mubiri gwange, angiragire okunziika. 13Mazima mbakoba nti Enjiri eno buli gy'eneebuulirwanga mu nsi gyonagyona, n'ekyo omukali ono ky'akolere kyatumulwangaku okumwijukira.14Awo omumu ku abo eikumi n'ababiri, eyayeteibwe Yuda Isukalyoti, n'ayaba eri bakabona abakulu, 15n'akoba nti Mwikiriirye kumpa ki, nzena ndimuwaayo gye muli? Ne bamugerera ebitundu bya feeza asatu. 16N'asookera awo okusagira eibbanga bweyamuwaayo.17Naye ku lunaku olusookerwaku olw'emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne baiza eri Yesu, ne bakoba nti Otaka tuteekereteekere waina Okubitaku gy'ewqkuliira? 18N'akoba nti Mwabe mu kibuga ewa gundi, mumukobe nti Omuyigiriza akobere nti Ekiseera kyange kirimumpi okutuuka; ewuwo gye naaliira Okubitaku n'abayigirizwa bange. 19Abayigirizwa ne bakola nga Yesu bw'abalagiire; ne bateekateeka Okubitaku.20Awo obwire bwe bwawungeire, n'atyama okulya n'abayigirizwa eikumi n'ababiri; 21era babbaire balya; n'akoba nti Mazima mbakoba nti omumu ku imwe yandyamu olukwe. 22Ne banakuwala inu, ne batandiika mumu ku mumu okumukoba nti Mukama wange, niiye nze?23Yeena n'airamu n'akoba nti Oyo akozerye awamu nanze mu kibya, niiye eyandyamu olukwe. 24Omwana w'omuntu ayaba, nga bwe yawandiikiirwe: naye gisangire omuntu oyo eyandyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibbaire kisa eri oyo singa teyazaalibwe omuntu oyo. 25Yuda, eyamuliiremu olukwe, n'airamu n'akiba nti Labbi, niiye nze? N'amukoba nti Iwe otumwire.26Era babbaire bakaali balya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebalya, n'agumenyamu; n'awa abayigirizwa, n'akoba nti Mutoole, mulye; guno niigwo mubiri gwange.27N'atoola ekikompe, ne yeebalya, n'abawa, ng'akoba nti Munywe ku kino mwenamwena; 28kubanga kino niigwo musaayi gwange ogw'endagaanu, oguyiika ku lw'abangi olw'okutoolawo ebibbiibi. 29Naye mbakoba nti Tindinywa n'akatono okusooka atyanu ku guno ogubala ku muzabbibu, okutuusya ku lunaku ludi lwe ndigunywa omuyaaka awamu naimwe mu bwakabaka bwa Itawange.30Bwe baamalire okwemba ne bafuluma okwaba ku lusozi olwa Zeyituuni. 31Awo Yesu n'abakoba nti Imwe mwenamwena mwesitala ku lwange obwire buno: kubanga kyawandiikibwe nti Ndikubba omusumba, n'entama egy'omu kisibo girisaansaanyizibwa. 32Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibatangira okwaba e Galiraaya.33Naye Peetero n'airamu n'amukoba nti Bonabona bwe besitala ku lulwo, nze tinesitale n'akatono. 34Yesu n'amukoba nti Mazima nkukoba nti Mu bwire buno, enkoko yabba ekaali kukokolyoka, wanegaana emirundi isatu. 35Peetero n'amugamba nti waire nga kiŋwanira okufiira awamu naiwe, tinakwegaane n'akatono. N'abayigirizwa bonabona ne batumula batyo.36Awo Yesu n'atuuka nabo mu kifo ekyetibwa Gesusemane, n'akoba abayigirizwa be nti Mutyame wano, njabe edi nsabe. 37N'atwala Peetero n'abaana ba Zebbedaayo bombiri, n'atandika okunakuwala n'okweraliikirira einu. 38Awo n'abakoba nti Omwoyo gwange guliku enaku nyingi, zigenda kungita : mubbe wano, mumoge nanze.39N'atambulaku katono, n'avuunama, n'asaba, n'akoba nti Ai Itawange, ekikompe kino kinveeku, oba kisoboka: naye ti nga nze bwe ntaka wabula nga Iwe bw’otaka. 40Naira eri abayigirizwa, n'abasanga nga bagonere, n'akoba Peetero nti Koizi temusoboire kumoga nanze n'esaawa eimu? 41Mumoge musabe, muleke okuyingira mu kukemebwa: omwoyo niigwo gutaka naye omubiri niigwo munafu.42Ate n'ayaba omulundi ogw'okubiri, n'asaba, ng'akoba nti Ai Itawange, oba nga kino tekisobola kunvaaku, wabula nze okukinywa, ky'otaka kikolebwe. 43N'aiza ate n'abasanga nga bagonere, kubanga amaiso gaabwe gabbaire gakambaaga. 44N'abaleka ate, n'ayaba, n'asaba omulundi ogw'okusatu, n'atumula ate ebigambo bimu ne bidi.45Awo n'aiza eri abayigirizwa, n'abakoba nti Mugonere dala atyanu, muwumule: bona, ekiseera kiri kimpi okutuuka, n'Omwana w'omuntu aweweibweyo mu mikono gy'abalina ebibbiibi. 46Muyimuke twabe: bona, andyamu olukwe alikumpi okutuuka.47Yabbaire akaali atumula, bona, Yuda, omumu ku ikumi n'ababiri, n'aiza, ng'alina ebibiina bingi ebirina ebitala n'emiigo, nga bava eri bakabona abakulu n'abakaire b'abantu. 48Naye oyo amulyamu olukwe yabawaire akabonero, ng'akoba nti Gwe naanywegera, nga niiye oyo: mumukwate.49Amangu ago n'aiza awali Yesu, n'akoba nti Mirembe, Labbi; n'amunywegera inu. 50Yesu n'amukoba nti Munange, kola ky'oiziriire. Awo ne baiza, Yesu ne bamuteekaku emikono, ne bamukwata.51bona, omumu ku abo ababbaire no Yesu, n'agolola omukono, n'asowola ekitala kye, n'atema omwidu wa kabona asinga obukulu, n'amusalaku okitu. 52Awo Yesu n'amukoba nti Ekitala kyo kiirye mu kifo kyakyo: kubanga abo bonabona abakwata ekitala balifa kitala. 53Oba olowooza nti tinsobola kwegayirira Itawange, yeena n'ampeererya atyanu bamalayika okusinga liigyoni eikumi n'eibiri? 54Kale byatuukirira bitya ebyawandiikiibwe nti kigwanira okubba bityo?55Mu kiseera ekyo Yesu n'akoba ebibiina nti Muli ng'abaizirire omunyagi n'ebitala n'emiigo okunkwata? Natyamanga buli lunaku mu yeekaalu nga njegeresya, ne mutankwata. 56Naye kino kyonakyona kitukire, banabbi bye baawandiikire era bituukirizibwe. Awo abayigirizwa bonabona ne bamwabulira, ne bairuka.57Ne badi abaakwaite Yesu, ne bamutwala ewa Kayaafa kabona asinga obukulu, abawandiiki n'abakaire gye baakuŋaaniire. 58Naye Peetero n'amuvaaku enyuma wala, okutuuka mu kigangu kya kabona asinga obukulu, n'ayingira mukati, n'atyama n'abaweereza, abone we byaikira.59Naye bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonabona ne basagira obujulirwa obw'obubeeyi ku Yesu, kaisi bamwite; 60ne batabubona, waire ng'abajulizi ab'obubbeyi bangi abaizire. Naye oluvannyuma ne baiza babiri, 61ne bakoba nti Ono yakobere nti Nsobola okumenya yeekaalu ya Katonda, n'okugizimbira enaku isatu.62Kabona asinga obukulu n'ayemerera, n'amukoba nti Toiramu n'akatono? kigambo ki bano kye bakulumirirya? 63Naye Yesu n'asirika. Kabona asinga obukulu n'amukoba nti Nkulayirya Katonda omulamu, tukobere oba nga niiwe Kristo, Omwana wa Katonda. 64Yesu n'amukoba nti Otumwire: naye mbakoba nti Okusooka atyanu mulibona Omwana w'omuntu ng'atyaime ku mukono omuliiro ogw'amaani, ng'aizira ku bireri eby'eigulu.65Awo kabona asinga obukulu n'akanula ebivaalo bye, n'akoba nti Avoire Katonda: tutakira ki ate abajulirwa? bona, muwuliire atyanu obuvooli bwe: 66mulowooza mutya? Ne bairamu ne bakoba nti Agwaniire kufa.67Awo ne bamufujira amatanta mu maiso ge, ne bamukubba ebikonde: abandi ne bamukubba empi 68nga bakoba nti Tulagule Kristo: yani akukubbire?69Naye Peetero yabbaire atyaime wanza mu kigangu: omuwala n'aiza gy'ali, n'akoba nti Weena wabbaire wamu no Yesu Omugaliraaya. 70Naye ne yeegaanira mu maiso ga bonabona ng'akoba nti Ky'okoba tinkimaite.71Naye bwe yafulumire okutuuka mu kisasi, omuwala ogondi n'amubona n'akoba abantu abbaire awo nti N'ono yabbaire wamu no Yesu Omunazaaleesi. 72Ne yeegaana ate, n'alayira nti Omuntu oyo timumaite.73Ne wabitawo eibba nga itono, ababbaire bemereire awo ne baiza ne bakoba Peetero nti Mazima weena oli mwinaabwe; kubanga entumula yo ekutegeezerye. 74Awo n'amoga okukolima n'okulayira nti Omuntu oyo timumaite. Amangu ago enkoko n'ekolyooka. 75Peetero n'aijukira ekigambo Yesu kye yakobere nti Enkoko yabba ekaali okukolyooka waneegaanira emirundi isatu. N'afuluma ewanza, n'akunga inu amaliga.
1Naye obwire bwe bwakyeire bakabona abakulu bonabona n'a bakaire b'abantu ne bateesya wamu ebya Yesu okumwita: 2ne bamusiba, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato ow'eisaza.3Awo Yuda, eyamuliiremu olukwe, bwe yaboine ng'omusango gumusingire, ne yejusa, n'airirya bakabona abakulu n'abakadde ebitundu ebyo asatu ebya feeza 4ng'akoba nti Nayonoonere okulyamu olukwe omusaayi ogwabula kabbiibi. Naye ibo ne bamukoba nti Guno guli ku niife? musango gwo. 5Efeeza n'agisuula mu yeekaalu n'afuluma, n'ayaba neyeetuga.6Naye bakabona abakulu ne batwala ebitundu bidi ebya feeza, ne bakoba nti Kyo muzizo okubiteeka mu igwanika lya Katonda, kubanga muwendo gwo musaayi. 7Ne bateesya, ne bagigulamu olusuku lw’omubbumbi, okuziikangamu abagenni. 8Olusuku ludi kyeruva luyitebwa olusuku lw'omusaayi, ne atyanu.9Awo lwe kyatuukiriIre ekyatumuliirwe mu nabbi Yeremiya, ng'akoba nti Ne batwala ebitundu ebya feeza asatu, omuwendo gw'oyo gwe baalamwiire omuwendo, abantu ku baana ba Isiraeri gwe baalamwiire; 10ne babitoolamu olusuku lw'omubbumbi, nga Mukama bwe yandagiire.11Awo Yesu n'ayemerera mu maiso g'ow'eisaza: ow'eisaza n'amubuulya ng'akoba nti Niiwe Kabaka w'Abayudaaya? Yesu n'amukoba nti Otumwire. 12Bakabona abakulu n'abakaire bwe baamuloopere, n'atairamu n'akatono. 13Awo Piraato n'amukoba nti Towulira bigambo bino bye bakulumirirya bwe biri? 14Naye teyairiremu ne kigambo ne kimu: ow'eisaza n'okwewuunya ne yeewuunya inu.15Naye ku mbaga ow'eisaza yabbaire n'empisa okusumululiranga ekibiina omusibe mumu, gwe batakanga. 16Era mu biseera ebyo babbaire n'omusibe omumanyi, ayetebwa Balaba.17Awo bwe baakuŋaanire, Piraato n'abakoba nti Aluwa gwe mutaka mubasuwundulire? Balaba, oba Yesu ayetebwa Kristo? 18Kubanga yamanyire nga bamuweeseryaayo iyali. 19Naye bwe yatyaime ku ntebe ey'emisango, mukaali we n'amutumira, ng'akoba nti Omuntu oyo omutuukirivu tomukola kintu n'akatono: kubanga nalumiirwe atyanu bingi mu kirooto ku lulwe.20Naye bakabona abakulu n'abakaire ne babuulirira ebibiina okusaba Balaba, bazikirizye Yesu. 21Naye ow'eisaza n'airamu n'abakoba nti Ku abo bombiri aliwa gwe mutaka mubasuwundulire? Ne bakoba nti Balaba. 22Piraato n'abakoba nti Kale naakola ntya Yesu ayetebwa Kristo? Bonabona ne bakoba nti Akomererwe.23Yeena n'akoba nti Lwaki? ekibbiibi ky'akolere kiruwa? Naye ne bakaayana inu, ne bakoba nti Akonererwe. 24Naye Piraato bwe yaboine nga taasobole n'akatono, era nga bayingire okukaayana, n'akwata amaizi,n'anaaba mu ngalo mu maiso g'ekibiina ng'akoba nti Nze mbulaku kabbiibi olw'omusaayi gw'omuntu ono omutuukirivu: musango gwanyu.25Abantu bonabona ne bairamu ne Bakoba nti Omusaayi gwe gubbe ku niife, no ku baana baisu. 26Awo n'abasuwundulira Balaba : naye Yesu n'amukubba enkoba kaisi amuwaayo okukomererwa.27Awo basirikale b'ow'eisaza ne batwala Yesu mu kigango eky'emisango, ne bamukuŋaanyiziryeku ekitongole kyonakyoa. 28Ne bamwambula, ne bamuvaalisya olugoye olumyufu. 29Ne baluka engule ey'amawa, ne bagiteeka ku mutwe gwe, n'olugada mu mukono gwe omuliiro; ne bafukamira mu maiso ge, ne bamuduulira, nga bakoba nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!30Ne bamufujiira amatanta, ne batoola olugada ludi ne bamukubba mu mutwe. 31Awo bwe baamalire okumuduulira, ne bamwambulaku olugoye, ne bamuvaalisya ebivaalo bye, ne bamutwala okumukomerera.32Naye bwe babbaire bafuluma, ne basisinkana omumu Omukuleene, eriina lye Simooni: ne bamuwalirizia oyo yeetikke omusalaba gwe. 33Bwe baatuukire mu kifo ekyetebwa Gologoosa, amakulu gaakyo kifo kya kiwanga, 34ne bamuwa omwenge okunywa ogutabwirwemu omususa: naye bwe yalegereku, n'atataka kunywa.35Bwe baamalire okumukomerera, ne bagabana ebivaalo bye, nga bakubba akalulu; 36ne batyama awo ne bamulingirira. 37Ne bateeka waigulu ku mutwe gwe omusango gwe oguwandiikiibwe nti ONO NIIYE YESU KABAKA W'ABAYUDAAYA.38Awo abanyagi babiri ne bakomererwa naye, omumu ku mukono omuliiro, ogondi ku mukono omugooda . 39N'ababbaire babita ne bamuvuma, nga basisikya emitwe gyabwe, 40nga bakoba nti Niiwe amenya yeekaalu, agizimbira enaku eisatu, weerokole: oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musalaba oike.41Bakabona abakulu n'abawandiiki n'abakaire ne baduula batyo, nga bakoba nti 42Yalokoire bandi; tasobola kwerokola yenka. Niiye Kabaka wa Isiraeri; ave atyanu ku musalaba, feena twamwikirirya.43Yeesiga Katonda; amulokole atyanu, oba amutaka: kubanga yakobere nti Ndi Mwana wa Katonda. 44Abanyagi abaakomereirwe naye era boona ne bamuvuma batyo.45Naye okuva ku saawa ey'omukaaga yabbaire ndikirirya ku nsi yonayona okutuuka ku ssaawa ey'omwenda. 46Obwire bwe bwatuukire ng'essaawa ey'omwenda Yesu n'atumulira waigulu n'eidoboozi inene, ng'akoba nti Eri, Eri, lama sabakusaani? amakulu gaakyo nti Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundekeserye? 47Naye abandi ababbaire bemereirewo, bwe baawuliire, ne bakoba nti Ono ayeta Eriya.48Amangu ago mwinaabwe omumu n'airuka, n'atoola ekisuumwa, n'akizulya omwenge omukaatuuki, n'akiteeka ku lugada, n'amunywisya. 49Naye abandi ne bakoba nti Leka tubone nga Eriya yaiza okumulokola. 50Naye Yesu n'atumulira ate waigulu n'eidoboozi inene, n'alekula omwoyo gwe.51Bona, eigigi lya yeekaalu ne rikanukamu wabiri okuva waigulu okutuuka wansi; ensi n'ekankana; enjazi ne gyatika: 52entaana ne gibikuka; emirambo mingi egy'abatukuvu ababbaire bagonere ne gizuukizibwa; 53ne bava mu ntaana bwe yamalire okuzuukira, ne bayingira mu kibuga ekitukuvu, bangi ne bababona.54Naye omwami w'ekitongole, na badi ababbaire naye nga balingirira Yesu, bwe baboine ekikankanu, n'ebigambo ebibbairewo, ne batya inu, ne bakoba nti Mazima ono abbaire Mwana wa Katonda. 55Wabbairewo n'abakazi bangi abayemereire ewala nga balengera, abaabitanga no Yesu okuva e Galiraaya, abaamuweerezanga: 56mu abo mwabbairemu Malyamu Magudaleene, no Malyamu maye wa Yakobo ne Yose, no maye w'abaana ba Zebbedaayo.57Naye obwire bwabbaire buwungeera, n'aiza omuntu omugaiga, eyaviire Alimasaya, eriina lye Yusufu, era yeena yabbaire muyigirizwa wa Yesu: 58oyo n'ayaba eri Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu. Awo Piraato n'alagira okugumuwa.59Yusufu n'atwala omulambo, n'aguzinga mu bafuta enjeru, 60n'aguteeka mu ntaana ye enjaaka, gye yasimire mu lwazi: n'ayiringisya eibbaale einene n'aliteeka ku mulyango gw'entaana, n'ayaba. 61Wabbairewo Malyamu Magudaleene, no Malyamu ow'okubiri, nga batyaime mu maiso g'entaana.62Naye amakeeri, niilwo lunaku olwaiririire olw'Okuteekateeka, bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋaanira ewa Piraato, 63ne bakoba nti Omwami, twijukiire omubbeyi oyo eyagamba ng'akaali mulamu nti Enaku bwe giribitawo eisatu ndizuukira. 64Kale lagira bakuumire dala amalaalo okutuusya ku lunaku olw'okusatu, abayigirizwa be batera okwiza okumwibba, bakobe abantu nti Azuukiire mu bafu: era okukyama okw'oluvanyuma kulisinga kuli okwasookere.65Piraato n'abakoba nti Mulina abakuumi: mwabe, mugakuumire dala nga bwe muyinza. 66Boina ne baaba, ne bagakuumira dala amalaalo, eibbaale ne baliteekaku akabonero, n'abakuumi nga baliwo.
1Naye olunaku olwa sabbiiti bwe lwabbaire lwaba okuwaaku, ng'olunaku olw'olubereberye mu naku omusanvu luli kumpi okukya, Malyamu Magudaleene na Malyamu ow'okubiri ne baiza okubona amalaalo. 2Laba, ne wabbaawo ekikankanu ekinene ku nsi; kubanga malayika wa Mukama yaviire mu igulu, n'aiza n'ayiringisya eibbaale okulitoolawo, n'alityamaku.3Naye ekifaananyi kye kyabbaire ngo kumyansa, n'engoye gye gyabbaire gitukula ng'omuzira: 4era entiisia ye n'etengerya abakuumi, ne babba ng'abafiire.5Naye malayika n'airamu n'akoba abakali nti imwe temutya: kubanga maite nga musagira Yesu eyakomereirwe. 6Tali wano; kubanga azuukiire, nga bwe yakobere. Mwize, mubone ekifo Mukama we yagalamiire. 7Mwabe mangu, mukobere abayigirizwa be nti Azuukiire mu bafu; bona, Abatangiire okwaba e Galiraaya; gye mulimubonera: bona, mbakobeire.8Ne bava mangu ku ntaana, n'entiisia n'eisanyu lingi, ne bairuka okukobera abayigirizwa be. 9Bona, Yesu n'abasisinkana, n'akoba nti Mirembe. Ne baiza ne bamukwata ebigere, ne bamusinza. 10Awo Yesu n'abakoba nti Temutya: mwabe mubuulire bagande bange baabe e Galiraaya, gye balimbonera.11Naye bwe babbaire baaba, bona abakuumi abamu ne baiza mu kibuga, ne babuulira bakabona abakulu byonabona ebibbaireyo. 12Ne bakuŋaana wamu n'abakaire, ne bateesya wamu, ne babawa basirikale efeeza nyingi, 13ne bakoba nti Mukobanga nti Abayigirizwa niibo baizire obwire, ne bamwibba ife nga tugonere.14Naye ekigambo kino bwe kirikoberwa ow'eisaza, ife tulimuwooyawooya, naimwe tulibatoolaku omusango. 15Boona ne batwala effeeza, ne bakola nga bwe baaweereirwe: ekigambo kino ne kibuna mu Bayudaaya, okutuusya atyanu.16Naye abayigirizwa eikumi n'omumu ne baaba e Ggaliraaya, ku lusozi Yesu gye yabalagiire. 17Bwe bamuboine ne bamusinza: naye abandi ne babuusabuusa.18Yesu n'aiza n'atumula nabo, n'akoba nti Mpeweibwe obuyinza bwonbwona mu igulu no ku nsi. 19Kale mwabe, mufuule amawanga gonagona abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu liina lya Itawaisu n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu;20nga mubegerasya okukwata byonabyona bye nabalagiire imwe: era, bona, nze ndi wamu naimwe enaku gyonagyona, okutuusya emirembe gino lwe giriwaawo.
1Okusooka kw'enjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda. 2Nga bwe kyawandiikiibwe mu nabbi Isaaya nti Bona, nze ntuma omubaka wange mu maiso go, Alirongoosia oluguudo lwo; 3Eidoboozi lye atumulira waigulu mu idungu nti Mulongoosie oluguudo lwa Mukama, Muluŋamye amangira ge;4Yokaana yaizire eyabatizire mu idungu n'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okutoolebwaku ebibbiibi. 5N'ensi yonayona ey'e Buyudaaya n'ab'e Yerusaalemi bonabona ne bavaayo ne baiza gy'ali ne babatizibwa iye mu mwiga Yoludaani nga baatula ebibbiibi byabwe. 6No Yokaana yavaalanga byoya bya ŋamiya, n'olukoba lw'ekiwu mu nkende ye, ng'alya enzige n'omujenene gw'enjuki egy'omu nsiko.7N'abuulira ng'akoba nti Aiza enyuma wange niiye ansinga amaani, so tinsaanira kukutama kutagulula lukoba lwe ngaito gye. 8Nze nababatizire n'amaizi, naye oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu.9Awo olwatuukire mu naku egyo Yesu n'ava e Nazaaleesi eky'e Galiraaya n'aiza okubatizibwa Yokaana mu Yoludaani. 10Amangu ago bwe yaviire mu maizi, n'abona eigulu nga likanukire, n'Omwoyo ng'ali ng'eiyemba ng'aika ku iye: 11n'eidoboozi ne lifuluma mu igulu erikoba nti Niiwe Mwana wange gwe ntaka, gwe nsanyukira einu.12Amangu ago Omwoyo n'amubbingira mu idungu. 13N'amalayo mu idungu enaku ana ng'akemebwa Setaani; n'abba wamu n'ensolo; bamalayika ne bamuweereza.14Awo oluvanyuma Yokaana ng'amalire okuweebwayo, Yesu n'aiza e Galiraaya, ng'abuulira enjiri ya Katonda, 15ng'akoba nti Ekiseera kituukire, obwakabaka bwa Katonda busembeire, mwenenye, mwikirirye enjiri.16Bwe yabbaire ng'abita ku lubalama lw'enyanza ey'e Galiraaya n'abona Simooni no Andereya mugande wa Simooni nga basuula obutiimba mu nyanza, kubanga babbaire bavubi. 17Yesu n'akoba nti Mwize mubite nanze, ndibafuula abavubi b'abantu. 18Amangu ago ne baleka awo obutiimba ne baaba naye.19Bwe yasembeireyo mu maso katono, n'albona Yakobo omwana wa Zebbedaayo n Yokaana mugande, abo bombiri babbaire mu lyato nga bayunga obutiimba. 20Amangu ago n'abeeta: ne baleka awo itawabwe Zebbedaayo mu lyato ng'ali n'abo abakoleire empeera, ne bamusengererya.21Ne bayingira e Kaperunawumu; amangu ago ku lunaku lwa sabbiiti n'ayingira mu ikuŋaaniro n'ayegeresya. 22Ne bawuniikirira olw'okwegeresya kwe: kubanga yabegereserye nga niiye mwene buyinza, so ti ng'abawandiiki.23Amangu ago mu ikuŋaaniro lyabwe mwabbairemu omuntu aliku dayimooni omubbiibi; n'akunga 24ng'akoba nti Otuvunaana ki, Yesu ow'e Nazaaleesi? oizire kutuzikirizia? nkumaite iwe, oli Mutukuvu wa Katonda. 25Yesu n'amubogolera ng'akoba nti Sirika, muveeku. 26Dayimooni n'amutaagula n'akunga eidoboozi inene n'amuvaaku.27Ne beewuunya bonabona, ne beebuulyagana nga bakoba nti kiki kino? okwegeresya kuyaaka! alagira n'obuyinza dayimooni ne bamuwulira. 28Amangu ago eitutumu lye ne libuna ensi yonayona eriraine Galiraaya.29Amangu ago bwe baafulumire mu ikuŋŋaaniro ne baaba wamu no Yakobo no Yokaana mu nyumba ya Simooni ne Andereya. 30Awo maaye wamuka Simooni yabbaire ng'agalamiire ng'alwaire omusujja; amangu ago ne bamukobera bw'ali: 31n'aiza n'amukwata ku mukono n'amugolokosia, omusuja ne gumuwonaku, n'abaweereza.32Awo olweigulo, eisana nga ligwire, ne bamuleetera abalwaire bonabona, n'abo abaliku dayimooni. 33N'ekibuga kyonakyona ne kikuŋaanira ku wankaaki. 34N'awonya bangi ababbaire balwaire endwaire nyingi, n'abbinga dayimooni bangi n'atabaganya kutumula kubanga baamumanyire.35Awo amakeeri einu, nga bukaali bwire, n'agolokoka n'afuluma n'ayaba mu idungu, n'asabira eyo. 36Simooni n'abo ababbaire naye ne bamusengererya; 37ne bamubona ne bamukoba nti Bonabona bakusaagira.38N'abakoba nti Twabe awandi mu bibuga ebiri okumpi mbuulire n'eyo; kubanga ekyo nookyo naiziriire. 39N'ayingira mu makuŋaaniro gaabwe mu Ggaliraaya yonayona, ng'abuulira ng'abbinga dayimooni.40Omugenge n'aiza gy'ali, ng'amwegayirira ng'amufukaamirira ng'amukoba nti Bw'otaka, oyinza okunongoosia. 41N'amusaasira n'agolola omukono gwe n'amukwataku n'amukoba nti Ntaka; longooka. 42Amangu ago ebigenge bye ne bimuwonaku n'alongooka.43N'amukuutira inu amangu ago n'amusindika 44n'amukoba nti bona tokoberaku muntu; naye yaba weerage eri kabona, oweeyo olw'okulongooka kwo Musa bye yalagiire okubba omujulirwa gye bali.45Yeena n'afuluma, n'asooka okukibuulira einu n'okubunya ekigambo, n'okuyinza n'atasobola Yesu okwegeresya ate mu kibuga mu lwatu, naye yabbaire wanza mu malungu; ne baiza gy'ali nga bava wonawona.
1Awo enaku bwe gyabitirewo n'ayingira ate mu Kaperunawumu, ne kiwulirwa ng'ali mu nyumba. 2Ne bakuŋaana bangi, n'okutuukawo ne batatuukawo ate waire mu mulyango: n'ababuulira ekigambo.3Ne baiza abaaleeta omulwaire akoozimbire nga bamwetikire bana. 4Naye bwe baalemereirwe okumusemberera olw'ekibiina, ne babikkula waigulu ku nyumba we yabbaire: ne bawumulawo ekituli ne bamwikirya ku kitanda akoozimbire kwe yabbaire agalamiire.5Yesu bwe yaboine okwikirirya kwabwe n'akoba akoozimbire nti Mwana wange, ebibbiibi byo bikutooleibweku. 6Naye wabbairewo abawandiiki abamu nga batyaime nga balowooza mu myoyo gyabwe nti 7Ono kiki ekimutumulya atyo? Avoola: yani ayinza okutoolaku ebibbiibi wabula mumu, niiye Katonda?8Amangu ago Yesu bwe yategeire mu mwoyo gwe nga balowooza batyo munda yaabwe n'akoba nti Kiki ekibalowoozesya ebyo mu myoyo gyanyu? 9Ekyangu kiriwaina? okukoba akoozimbire nti Ebibbiibi byo bikutooleibweku; oba okukoba nti Golokoka, weetike ekitanda kyo oyabe?10Naye mumanye nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okutoolaku ebibbiibi n'akoba akoozimbire nti 11Nkukoba, Golokoka, weetikke ekitanda kyo, oireyo mu nyumba yo. 12N'agolokoka, ne yeetika amangu ago ekitanda, n'afuluma mu maiso gaabwe bonabona; awo ne beewuunya bonabona ne bagulumizia Katonda nga bakoba nti Tetubonangaku tuti.13N'avaawo ate n'ayaba ku lubalama lw'enyaza; ebibiina byonabyona ne baiza w'ali, n'abegeresya. 14Awo bwe yabbaire ng'abita, n'abona Leevi omwana wa Alufaayo ng'atyaime mu gwoolezio, n'amukoba nti Bita nanze. N'agolokoka n'abita naye.15Awo bwe yabbaire ng'atyaime mu nyumba y'oyo ng'alya, abawooza bangi n'ababbaire n'ebibbiibi ne batyama wamu no Yesu n'abayigirizwa be; kubanga babbaire bangi, abaabire naye. 16Abawandiiki ab'omu Bafalisaayo bwe baamuboine ng'alya wamu n'abalina ebibbiibi n'abawooza, ne bakoba abayigirizwa be nti Alya era anywira wamu n'abawooza n'abalina ebibbiibi.17Awo Yesu bwe yawuliire n'abakoba nti Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwaire: tinaizire kweta batuukiriru wabula abalina ebibbiibi.18Awo abayigirizwa ba Yokaana n’ab’Abafalisaayo babbaire nga basiiba; ne baiza ne bamukoba nti Kiki abayigirizwa ba Yokaana n'abayigirizwa b'Abafalisaayo ekibasiibya, abayigirizwa bo nga tebasiiba? 19Yesu n'abakoba nti Abaana b'obugole bayinza batya okusiiba akweire omugole ng'ali nabo? mu biseera byonabyona nga bali naye akweire omugole, tebasobola kusiiba.20Naye enaku girituuka, akweire omugole lw'alibatoolebwaku: Kaisi basiiba ku lunaku olwo. 21Wabula muntu atunga ekiwero eky'olugoye oluyaka ku kivaalo ekikaire; bwe kibba kityo kidi eky’oku kizibawo kikutula kidi, ekikaire ekiyaaka, ekituli ne kyeyongera.22Era wabula muntu afuka omwenge omusu mu nsawo egy'amawu enkaire: bwe kiba kityo omwenge gwabya ensawo egy'amawu, omwenge ne gufaafaagana n'ensawo egy'amawu gyoonooneka; naye omwenge omusu gufukibwa mu nsawo egy'amaliba enjaka.23Awo Olwatuukire yabbaire ng'atambula mu nimiro ku lunaku lwa sabbiiti; abayigirizwa be ne batandika okwaba nga banoga ebirimba. 24Abafalisaayo ne bamukoba nti bona, kiki ekibakozesya eky'omuzizo ku lunaku lwa sabbiiti?25N'abakoba nti Temusomangaku Dawudi kye yakolere, bwe yabbaire nga yeetaaga, n'alumwa enjala iye n'abo be yabbaire nabo? 26Bwe yayingiire mu nyumba ya Katonda, Abiyasaali bwe yabbaire nga niiye kabona asinga obukulu, n'alya emigaati egy'okulaga, egy'omuzizo okuliibwaku wabula bakabona, n'agiwa ne be yabbaire nabo?27N'abakoba nti Sabbiiti yabbairewo ku lwo muntu, so omuntu ti ku lwa ssabbiiti: 28kityo Omwana w'omuntu niiye mukama wa sabbiiti yoona.
1N'ayingira ate mu ikuŋaaniro; mwabbairemu omuntu eyabbaire n'omukono ogukalire. 2Ne bamulabirira oba yamuwonyerya ku lunaku lwa sabbiiti, era bamuloope.3N'akoba omuntu eyabbaire n'omukono ogwakalire nti Yemerera wakati awo. 4Awo n'abakoba nti Niikyo ekisa ku lunaku lwa sabbiiti okukola okusa iba okukola kubbiibi? kuwonya bulamu iba kwita? Naye ne basirika busiriki.5Bwe yabetooloire amaiso n'obusungu, ng'anakuwaire olw'okukakaayala kw'emyoyo gyabwe, n'akoba omuntu ati Golola omukono gwo. N'agugolola: omukono gwe ne guwona. 6Amangu ago Abafalisaayo ne bavaamu ne bateesia n'Abakerodiyaani ku iye, nga bwe bamuzikirizia.7Awo Yesu n'abayigirizwa be ne baaba ku nyanza, ebibiina bingi ne bimusengererya ebyaviire e Galiraaya n'e Buyudaaya 8e Yerusaalemi ne Idumaya n'emitala wa Yoludaani, n'abaliraine e Ttuulo n'e Sidoni, ekibiina kinene, bwe baawuliire bye yakolere, ne baiza gy'ali.9N'akoba abayigirizwa be eryato eitono limubbanga kumpi ebibiina bireke okumunyigirirya; 10kubanga yawonyerye bangi, n'okugwa abalwaire ne bamugwaku bamukwateku, bonabona Ababbaire balina ebibonyoobonyo.11Dayimooni ababbiibi boona bwe baamuboine ne bagwa mu maiso ge ne bakakunga nga bakoba nti Iwe Mwana wa Katonda. 12N'abakuutira inu baleke okumwatiikirirya.13Awo n'aniina ku lusozi n'abeeta gy'ali b'ataka: ne baaba gy'ali. 14N'ayawulamu eikumi n'ababiri okubbanga awamu naye, era abatumenga okubuulira, 15n'okubba n'obuyinza okugobanga emizimu: 16Simooni n'amutuuma eriina Peetero;17no Yakobo omwana wa Zebbedaayo, no Yokaana, mugande wa Yakobo; boona n'abatuuma amaina Bowanerege, amakulu gaalyo nti Baana bo kubwatuka: 18no Andereya no Firipo, no Battolomaayo, no Matayo, no Tomasi, no Yakobo omwana wa Alufaayo, no Saddayo, no Simooni Omukananaayo, 19no Yuda Isukalyoti, niiye yamuliiremu olukwe. N'aiza mu nyumba,20ekibiina ne kikuŋaana ate, n'okusobola ne batasobola no kulya mere. 21Awo ababe bwe baawuliire ne bafuluma okumukwata, kubanga bakobere nti Alalukire. 22Awo abawandiiki abaaserengetere okuva e Yerusaalemi ne bakoba nti Alina Beeruzebuli, era nti Abbinga dayimooni ku bwo mukulu wa badayimooni.23N'abeeta gy'ali, n'abakobera mu ngero nti Setaani asobola atya okubbinga Setaani? 24Obwakabaka bwe bwawukanamu bwo bwonka, obwakabaka obwo tebusobola kwemerera. 25N'enyumba bw'eyawukanamu iyo yoka, enyumba eyo terisobola kwemerera.26Era oba Setaani yeegolokokeireku iye yenka, n'ayawukanamu, tasobola kwemerera, naye awaawo. 27Naye wabula muntu asobola okuyingira mu nyumba y'omuntu ow'amaani okunyaga ebintu bye, nga tasookere kusiba oyo ow'amaani, kaisi n'anyaga enyumba ye.28Mazima mbakoba nti Abaana b'abantu balisonyiyibwa ebibbiibi byabwe byonabyona, n'obuvooli bwabwe bwe balivoola bwonabwona; 29naye oyo yenayena eyavoolanga Omwoyo Omutukuvu abula kusonyiyibwa emirembe n'emirembe, naye akolere omusango ogw'ekibbiibi eky'emirembe n'emirembe: 30kubanga bwatumula nti Alina dayimooni.31Awo maye na bagande ne baiza, ne bamutumira ne bamweta nga bemereire ewanza. 32N'ekibiina kyabbaire kityaime nga bamwetooloire; ne bamukoba nti bona, mawo na bagande bo bali wanza bakusagira.33N'abairamu ng'akoba nti Mawange niiye ani na bagande bange? 34n'abeetooloolya amaiso Ababbaire batyaime enjuyi gy'onagyona nga bamwetooloire n'akoba nti Bona, mawange na bagande bange! 35Kubanga buli muntu yenayena ayakolanga Katonda by'ataka, oyo niiye mugande wange, ye mwanyinanze, niiye mawange.
1Ate n'atandiika okwegeresya ku lubalama lw'enyanza. Ekibiina kinene inu ne kikuŋaanira w'ali, n'okusaabala n'asaabala mu lyato, n'alinga mu nyanja; ekibiina kyonakyona ne kibba ku nyanza ku itale. 2N'abegeresya bingi mu ngero, n'abakoba mu kwegeresya kwe nti3Muwulire; bona, omusigi yafulumire okusiga: 4awo olwatuukire bwe yabbaire ng'asiga, egimu ne gigwa ku mbali kwe ngira enyonyi ne giiza ne gigirya. 5N'egindi ne gigwa awali enjazi awabula itakali elingi; amangu ago ne gimera, kubanga eitakali teyabbaire iwanvu6eisana bwe lyayakire, ne giwotookerera; era kubanga tegyabbaire n'emizi, ne gikala. 7Engindi ne gigwa awali amawa, amawa ne galoka, ne gagizisia ne gitabala bibala.8Egindi ne zigwa ku itakali eisa, ne gibala ebibala ne bikula ne byeyongera; ne gizaala okutuusia asatu, era okutuusia enkaaga, era okutuusia ekikumi. 9N'akoba nti Alina amatu ag'okuwulira, awulire:10Awo bwe yabbaire yeka, abo ababbaire bamwetooloire n'eikumi n'ababiri ne bamubuulya ku ngero egyo. 11N'abakoba nti Imwe mwaweweibwe ekyama ky'obwakabaka bwa Katonda: naye badi ab'ewanza, byonabyona bibabbeera mu ngero: 12bwe babona babone, ne bateetegerezia; era bwe bawulira bawulire, ne batategeera; koizi baleke okukyuka era, okusonyiyibwa.13N'abakoba nti Temumaite lugero luno? kale mulitegeera mutya engero gyonagyona? 14Omusigi asiga kigambo. 15Bano niibo b'okumbali kw'engira, ekigambo bwe kisigibwa; awo bwe bawulira, amangu ago Setaani n'aiza n'atoolamu ekigambo ekyasiigiibwe mu ibo.16Ne bano batyo niibo badi abasigibwa awali enjazi, abo, bwe bawulira ekigambo, amangu ago bakikirirya n'eisanyu; 17ne batabba n'emizi mu ibo, naye bamala ekiseera kitono; awo bwe wabbaawo okubona enaku oba kuyiganyizibwa olw'ekigambo, amangu ago beesitala.18N'abandi niibo badi abasigibwa awali amawa; abo, bwe bawulira ekigambo, 19awo emitawaana gy'ensi n'obubbeyi bw'obugaiga, n'okwegomba kw'ebindi byonabyona bwe biyingira bizisia ekigambo, ne kitabala; 20n'abo niibo badi abasigibwa awali eitakali eisa; abawuliire ekigambo, abakikirirye, abandi ebibala asatu, n'enkaaga, n'ekikumi.21N'abakoba nti Etabaaza ereetebwa okuteekebwa mukati mu kiibo, oba wansi w'ekitanda, n'eteteekebwa waigulu ku kikondo? 22Kubanga wabula kigisibwa, naye kirimanyibwa; waire ekyagisiibwe, naye kiriboneka mu lwatu. 23Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire.24N'abakoba nti Mwekuume kye muwulira: mu kipimo mwe mupimira mweena mwe mulipimirwa: era mulyongerwaku. 25Kubanga, alina aliweebwa: n'abula alitoolebwaku n'ekyo ky'ali nakyo.26N'akoba nti Obwakabaka bwa Katonda buli buti, ng'omuntu bw'amansia ensigo ku itakali; 27n'agona n'asituka obwire n'emisana, n'ensigo n'emeruka n'ekula, iye nga tamaite bw'emerukire. 28Ensi ebala yonka, okusooka kakoola, ate kirimba, ate ŋaanu enkulu mu kirimba. 29Naye emere bw'eyenga, amangu ago ateekaku ekiwabyo, kubanga okukungula kutuukire.30N'akoba nti Twbufaananya tutya obwakabaka bwa Katonda? Oba twabunyonyolera ku kifaananyi ki? 31Bufaanana ng'akampeke aka kaladaali, ako, bwe kasigibwa mu itakali, waire nga niiko katono okusinga ensigo gyonagyona egiri mu nsi, 32naye bwe kasigibwa kakula, kabba kanene okusinga eiva lyonlyona, kasuula amatabi amanene kale era enyonyi egy'omu ibbanga ne gisobola okutyama wansi w'ekiwokyo kyagwo.33N'abakoba ekigambo mu ngori nyingi ng'egyo, nga bwe basoboka okukiwulira: 34teyatumwire nabo awabula lugero: naye n'ategeezianga abayigirizwa be iye byonabyona mu kyama.35Awo ku lunaku olwo bwe bwabbaire buwungeire, n'abakoba nti Tuwunguke tutuuke emitala w'edi, 36Bwe baalekere ekibiina, ne bamutwalira mu lyato, nga bwe yabbaire, Era n'amaato agandi gabbaire naye. 37Awo omuyaga mungi ne gwiza, amayengo ne gayiika mu lyato, n'eryato lyabbaire nga lyaba okuzula.38Iye mwene yabbaire agonere mu kiwenda ku kigugu, ne bamuzuukya, ne bamukoba nti Omuyigiriza, tofaayo nga tufa? 39N'azuuka, n'abogolera omuyaga, n'akoba enyanza nti Sirika, teeka. Omuyaga ne gwikaikana, n'ebba nteefu inu.40N'abakoba nti Kiki ekibatiisya? Mukaali kubba n'okwikirirya? 41Ne batya entiisia nene, ne bakobagana nti Kale ono niiye ani, kubanga omuyaga n'enyanza bimuwulira?
1Ne batuuka emitala w'enyanza mu nsi y'Abagerasene. 2Bwe yaviire mu lyato, amangu ago omuntu eyabbaireku dayimooni eyaviire mu ntaana n'amusisinkana,3eyagonaanga mu ntaana; nga wabula muntu asobola kumusiba, waire ku lujegere, 4kubanga emirundi mingi yateekeibwe mu masamba, no mu njegere, enjegere n'agikutula, n'amasamba n'agamenyaamenya: ne watabba muntu wa maani okumusobola.5Naye bulijjo, obwire n'emisana, yakungiranga mu ntaana no ku nsozi, ne yeesala n'amabbaale. 6Bwe yalengeire Yesu ng'akaali wala, n'airuka n'amusinza; n'akunga n'eidoboozi inene7ng'akoba nti Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda, Ali waigulu einu? Nkulayizia Katonda, tombonerezia. 8Kubanga yamukobere nti Va ku muntu ono, iwe dayimooni.9N'amubuulya nti Eriina lyo niiwe ani? N'amukoba nti Eriina lyange Liigyoni; kubanga tuli bangi. 10N'amwegayirira inu aleke okumubbinga mu nsi eyo.11Awo ku lusozi wabbairewo eigana ly'embizi inene nga girya. 12N'amwegayirira, ng'amukoba nti Tusindike mu mbizzi tugiyingiremu. 13N'amwikirirya, Dayimooni n'avaamu, n'ayingira mu mbizi: eigana ne lifubutuka ne liserengetera ku ibbanga mu nyanza, gyabbaire ng'enkumi ibbiri, ne zifiira mu nyanza.14Awo Ababbaire bagirunda ne bairuka, ne babuulira ab'omu kibuga, n'ab'omu byalo, ne baiza okubona ebibbairewo bwe biri. 15Ne batuuka awali Yesu, ne babona eyabbaireku dayimooni ng'atyaime, ng'avaire nga alina amagezi, oyo eyabbaireku liigyoni; ne batya.16Abandi ne babanyonyola ebimubbaireku oyo eyabbaireku dayinooni, era n'eby'embizi. 17Ne batandika okumwegayirira okuva mu nsalo gyabwe.18Awo bwe yabbaire ng'asaabala mu lyato, oyo eyabbaireku dayimooni n'amwegayirira abbe naye. 19N'atamuganya, naye yamukobere nti Yaba eika mu babo, obakobere bwe biri ebikulu Katonda by'akukoleire, no bw'akusaasiire. 20N'ayaba, n'atandika okubuulira mu Dekapoli bwe biri ebikulu Yesu bye yamukoleire. Abantu bonabona ne beewuunya.21Awo Yesu bwe yawungukire ate mu lyato n'atuuka eitale, ebibiina bingi ne bikuŋaanira w'ali; iye ng'ali kumpi n'enyanza. 22Omumu ow'oku bakulu b'eikuŋaaniro, eriina lye Yayiro, n'aiza; bwe yamuboine, n'avuunama ku bigere bye, 23n'amwegayirira inu ng'akoba nti Omuwala wange omutomuto ali kumpi okufa: nkwegayirira oize, omuteekeku emikono gyo, aire mu mbeera ye, alamuke. 24N'ayaba naye; ekibiina ekinene ne kimusengererya, ne bamunyigirirya.25Awo omukali eyabbaire alwaire ekikulukuto ky'omusaayi emyaka ikumi naibiri, 26eyatengejere einu eri abasawo abangi, n'awangayo bye yabbaire nabyo byonabyona, so n'atabbaaku kimugasa, naye ne yeeyongeranga bweyongeri okulwala, 27bwe yawuliire ebigambo bya Yesu, n'aizira mu kibiina enyuma we n’akoma ku kivaalo kye.28Kubanga yakobere nti Bwe nkomaku obukomi ku bivaalo bye, naawona. 29Amangu ago ensulo ey'omusaayi n'ekala, n'ategeera mu mubiri gwe ng'awonyezeibwe ekibonyoobonyo kye.30Amangu ago Yesu bwe yategeire mukati mu iye amaani agamuviiremu, n'akyuka mu kibiina n'akoba nti Yani ankwaite ku bivaalo byange? 31Abayigirizwa be ne bamukoba nti Obona ekibiina bwe bakunyigirirya, n'okoba nti Yani akukwaiteku? 32Ne yeetooloolya amaiso okubona oyo akolere ekigambo ekyo.33Naye omukali ng'atya ng'atengera, ng'amaite ky'abbaire, n'aiza n'afukamira mu maiso ge, n'amukobera eby'amazima byonabyona. 34N'amukoba nti Muwala, okwikirirya kwo kukuwonyery; weyabire n'emirembe, owonere dala ekibonyoobonyo kyo.35Awo bwe yabbaire nga akaali atumula, abaaviire ew'omukulu w'eikuŋaaniro ne baiza, nga bakoba nti Omuwala wo afiire; oteganyirya ki ate Omwegeresya?36Naye Yesu n'atatekakaku mwoyo ku kigambo ekitumwirwe, n'akoba omukulu w'eikuŋaaniro nti Totya, ikirirya bwikiriri. 37N'ataganya muntu kwaba naye wabula Peetero no Yakobo, no Yokaana, mugande wa Yakobo. 38Ne batuuka ku nyumba y'omukulu w'eikuŋaaniro, n'abona okwazirana, n'abakunga, n'abakubba ebiwoobe ebingi.39Awo bwe yayingiire n'abakoba nti Kiki ekibaiziranya n'ekibakungisya? omuwala tafiire, naye agonere bugoni. 40Ne bamusekerera inu. Naye bwe yabafulumirye bonabona, n'atwala Itaaye w'omuwala no maye naabo Ababbaire naye, n'ayingira omuwala mw'ali.41Awo n'akwata omukono gw'omuwala, n'amukoba nti Talusa kumi okutegeezebwa kwakyo nti muwala, nkukoba nti Golokoka. 42Amangu ago omuwala n'agolokoka, n'atambula; kubanga yabbaire yaakamala emyaka ikumi n'aibiri. Amangu ago ne bawuniikirira okuwuniikirira kunene. 43N'abakuutira inu buli muntu yenayena aleke okukimaaya ekyo: n'alagira okumuwa eky'okulya.
1N'avaayo; n'aiza mu nsi y'ewaabwe; abayigirizwa be ne baaba naye. 2Awo sabbiiti bwe yatuukiire, n'atandika okwegeresya mu ikuŋaaniro: abangi bwe baamuwulira ne bawuniikirira, nga bakoba nti Ono ebyo yabitoire wa? era nti Magezi ki gano ge yaweweibwe ono, era eby'amagero ebyenkaniire wano ebikolebwa mu mikono gye? 3Ti niiye ono omubaizi, omwana wa Malyamu, mugande wa Yakobo, no Yose, no Yuda no Simooni? Ne bainyina tetuli nabo wano ewaisu? Ne bamwesitalaku.4Yesu n'abakoba nti Nabbi tabulwa ekitiibwa wabula mu nsi ye wabwe, no mu kika kye, ne mu nyumba ye. 5So teyasoboire kukolerayo kya magero kyonakyona, naye yateekere emikono gye ku balwaire batono, n'abawonya. 6Ne yeewuunya olw'obutaikirirya bwabwe. Ne yeetooloola mu mbuga enjuyi gyonagyona ng'ayegeresya.7N'ayeta gy'ali eikumi n'ababiri, n'atanula okubatuma babiri babiri; n'abawa obuyinza ku dayimooni; 8n'abalagira obutatwala kintu kyo mu ngira wabula omwigo gwonka; ti mere, waire ensawo, waire ebikomo mu nkoba gyaabwe, 9naye nga banaanikire engaito; era temuvaalanga kanzo ibiri.10N'abakoba nti Buli nyumba yonayona mwe muyingiranga mubbenga omwo okutuusia lwe mulivaayo. 11Na buli kifo kyonakyona ekitalibaikirirya, obutabawulira, bwe muvangayo, mukunkumulanga enfuufu eri mu bigere byanyu okubba omujulizi gye bali.12Ne baaba ne babuulira abantu okwenenya. 13Ne bagoba dayimooni mungi; ne basiiga amafuta ku balwaire bangi ne babawonya.14Awo Kerode kabaka n'awulira, kubanga eriina lye lyatiikiriire; n'akoba nti Yokaana Omubatiza azuukiire mu bafu, amaani gano kyegwaviire gakolera mu iye. 15Naye abandi ne bakoba nti Niiye Eriya. Abandi ne bakoba nti Nabbi, ng'omumu ku banabbi.16Naye Kerode, bwe yawuliire n'akoba nti Yokaana gwe natemereku omutwe nze, niiye azuukiire. 17Kubanga Kerode mwene yatumire, n'akwata Yokaana, n'amusiba n'amuteeka mu ikomera olwa Kerodiya, mukazi wa muganda we Firipo: kubanga yamukweire.18Kubanga Yokaana yakobere Kerode nti Kyo muzizo iwe okubba no mukaali wo mugande wo. 19No Kerodiya kyeyaviire amwesoomera n'ataka okumwita, n'atasobola; 20kubanga Kerode yatiire Yokaana, ng'amumaite nga mutuukirivu mutukuvu, n'amukuuma. Yatakanga inu okuwulira by'atumula; naye ate yamulekanga nga tamaite kyo kukola.21Awo olunaku olusa bwe lwatuukire, Kerode lwe yafumbiire abakungu be embaga ku lunaku olw'okuzaalibwa kwe, n'abakulu ba basirikale, n'abaami ab'e Galiraaya: 22awo muwala wa Kerodiya mwene bwe yaizire n'akina, Kerode n'abo ababbaire batyaime naye nga balya ne bamusiima; awo kabaka n'akoba omuwala nti Nsaba ky'otaka kyonakyona, naakikuwa.23N'amulayirira nti Kyonakyona kyewansaba, naakikuwa, waire ekitundu eky'obwakabaka bwange. 24Awo n'afuluma, n'akoba maye nti Nasaba ki? N'amuba nti Omutwe gwa Yokaana Omubatiza. 25Amangu ago n'ayanguwaku n'aiza eri kabaka, n'asaba, ng'akoba nti Ntaka ompe atyanu mu lutiba omutwe gwa Yokaana Omubatiza.26Awo kabaka n'anakuwala inu; naye olw'ebirayiro bye, n'abo ababbaire batyaime naye nga balya, n’atataka kumwima. 27Amangu ago kabaka n'atuma sirikale omumbowa, n'alagira okuleeta omutwe gwe; n'ayaba n'amutemeraku omutwe mu ikomera, 28n'aleetera omutwe gwe mu lutiba, n'aguwa omuwala, n'omuwala n'aguwa maye. 29Awo abayigirizwa be bwe baawuliire, ne baiza ne batwala omulambo gwe, ne baguteeka mu ntaana.30Abatume ne bakuŋaanira awali Yesu; ne bamukobera ebigambo byonabyona, bye bakolere, ne bye bayegereserye. 31N'abakoba nti Mwizee imwe mwenka kyama mu kifo ebula bantu muwumuleku katono. Kubanga waaliwo bangi abaiza n'abaaba, so ne batabba na ibbanga waire aw'okuliira. 32Ne baabira mu lyato kyama mu kifo ebula bantu.33Ne bababona nga baaba, bangi ne babategeera, boona abaaviire mu bibuga byonabyona ne bairuka ku itale, ne babasookayo. 34Bwe yaviire mu lyato n'abona ebibiina bingi, n'abasaasira, kubanga babbaire ng'entama egibula musumba; n'atandika okubegeresya ebigambo bingi.35Awo obwire bwe bwabbaire bubitire, abayigirizwa be ne baiza w'ali, ne bakoba nti Ekifo kino kye idungu, ne atyanu obwire bubitire: 36basiibule, baabe mu byalo ne mu mbuga eby'oku njuyi gyonagyona beegulire emere.37Naye n'airamu, n'abakoba nti Imwe mubawe emere. Ne bamukoba nti Tuwabe tugule emigaati egy'edinaali ebibiri tugibawe balye? 38N'abakoba nti Mulina emigaati imeka? mwabe mubone. Bwe bategeire ne bakoba nti Itaanu, n'ebyenyanza bibiri.39N'abalagira batyame bonabona bibiina bibiina ku isubi. 40Ne batyama nyiriri nyiriri, ekikumi, n'ataanu. 41N'akwata emigaati itaanu n'ebyenyanza ebibiri, n'alinga waigulu, ne yeebalya, n'amenyamu emigaati, n'awa abayigirizwa be bagiteeke mu maiso ga bali; n'ebyenyanza bibiri n'abigabira bonabona.42Ne balya bonabona ne baikuta. 43Ne bakuŋaanya obukunkumuka, ne bwizulya ebiibo ikumi na bibiri, n'ebyenyanza. 44Abo abaalire emigaati babbaire abasaiza enkumi itaanu.45Amangu ago n'abawalirizia abayigirizwa be okusaabala mu lyato basookeyo eitale w'edi e Besusayida, iye amale okusiibula ebibiina. 46Awo bwe yamalire okubasiibula n'ayaba ku lusozi okusaba. 47Awo bwe bwabbaire buwungeire, eryato lyabbaire mu nyanza ku buliba, iye yabbaire yenka ku lukalu.48Awo bwe yaboine nga bategana okuvuga, kubanga omuyaga gwabbaire gubafulumire mu maiso, mu kisisimuko eky'okuna eky'bwire n'aiza gye baali ng'atambulira ku nyanza; yabbaire ng'ayaba kubabitya: 49naye ibo, bwe baamuboine ng'atambulira ku nyanza, ne balowooza nti kifaananyi, ne bakunga; 50kubanga bonabona baamuboine, ne beeraliikirira. Naye amangu ago n'atumula nabo n'abakoba nti Mugume: niinze ono, temutya.51N'aniina mu lyato mwe babbaire, omuyaga ne gufa: ne bawuniikirira inu mukati mwabwe; 52kubanga eby'emigaati tebaabitegeire, naye emyoyo gyabwe gyabbaire mikakanyavu.53Awo bwe baawungukire, ne baiza mu nsi ey'e Genesaleeti, ne bagoba eitale 54Awo bwe baaviire mu lyato, amangu ago ne bamutegeera, 55ne bairuka ne beetooloola mu nsi eyo yonayona, ne batandika okusitulira ku bitanda abalwaire okubaleeta we baawuliire nga aliwo.56Na buli gye yayabanga, mu mbuga, oba mu bibuga, oba mu byalo, basanga abalwaire mu butale, ne bamwegayirira bakwateku bukwati ku lukugiro lw'olugoye lwe: boona abamukwatangaku ne bawona.
1Ne bakuŋaanira w'ali Abafalisaayo n'abawandiiki abamu abaaviire e Yerusaalemi,2era ababoine abayigirizwa be abamu ne balya emere yaabwe n'engalo embibbi, niigyo egitanaabiibwe 3Kubanga Abafalisaayo, n'Abayudaaya bonabona bwe batanaabire inu mu ngalo gyabwe, tebaliire, kubanga bakwata obulombolombo obw'abakaire 4era bwe baviire mu katale, bwe batanaabire, tebaliire: era waliwo n'ebindi bingi bye baaweweibwe okukwata, okunaabyanga ebikompe; n'ebibya, n'entamu egy'ebikomo.5Abafalisaayo n'abawandiiki ne bamubuulya nti Kiki abayigirizwa bo ekibalobera okutambulira mu bulombolombo obw'abakaire, naye bamala galya emere n'engalo embibbi?6N'abakoba nti Isaaya yalagwire kusa ku imwe bananfuusi, nga bwe kyawandiikiibwe nti Abantu bano bantekamu ekitiibwa kya ku minwa, Naye emitima gyabwe gindi wala. 7Naye bansinzizia bwereere, Nga begeresya amateeka g'abantu nga niibyo by'okukwata.8Muleka eiteeka lya Katonda, ne mukwata obulombolombo bw'abantu. 9N'abakoba nti Mugaanira dala kusa eiteeka lya Katonda, era mukwate obulombolombo bwanyu. 10Kubanga Musa yatumwire nti Oteekangamu ekitiibwa itaawo no mawo; era nti Avumanga itaaye Oba maye, bamwitanga bwiti:11naye imwe mutumula nti Omuntu bw'akoba itaaye oba maye nti Kyonakyona kye nandikuwaire okukugasa iye Kolubaani, ekitegeezebwa nti Kitone kya Katonda; 12temukaali mumuganya kukolera ekintu itaaye oba maye; 13mudibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwanyu, bwe mwayegereseibwe: era mukola ebigambo ebindi bingi ng'ebyo.14Ate n'ayeta ebibiina, n'abakoba nti Mumpulire mwenamwena, mutegeere; 15wabula kintu ekiri ewanza w'omuntu ekiyingira mu iye, ekiyinza okumwonoona, naye ebintu ebiva mu muntu, ebyo niibyo byonoona omuntu. 16Buli alina amatu ag'okuwulira, awulire.17Awo bwe yayingiire mu nyumba ng'aviire mu bibiina, abayigirizwa be ne bamubuulya olugero olwo. 18N'abakoba nti mutyo mweena mubula magezi? Temutegeera nga kyonakyona ekiri ewanza bwe kiyingira mu muntu, tekisobola kumwonoona; 19kubanga tekiyingira mu mwoyo gwe; naye mu kida kye, ne kibita ne kyaba mu kiyigo? Yatumwire atyo ng'alongoosa ebiriibwa byonabyona.20N'akoba nti Ekiva mu muntu; niikyo kyonoona omuntu. 21Kubanga mukati, mu myoyo gy'abantu, muvaamu ebirowoozo ebibbiibi, obukaba, 22okwibba, okwita, obwenzi, okwegomba: Obubbiibi, obukuusa, obuluvu, eriiso eibbiibi, obuvooli, amalala, obusiru; 23ebibbiibi ebyo byonabyona biva mukati ne byonoona omuntu:24N'agolokoka, n'avaayo n'ayaba ku butundu ebye Tuulo n'e Sidoni. N'ayingira mu nyumba n'atataka muntu kutegeera, so n'atasobola kwegisa. 25Naye amangu ago omukali eyabbaire muwala we eyabbaireku dayimooni, bwe yamuwuliire n'aiza n'afukamira ku bigere bye. 26Omukali yabbaire Muyonaani eigwanga lye mu Musulofoyiniiki. N'amwegayirira okugoba dayimooni ku muwala we.27N'amugamba nti Leka abaana bamale okwikuta kubanga ti kisa okukwata emere y'abaana okugisuulira embwa. 28Naye nti nairamu n'amukoba nti Niiwo awo Mukama wange n'embwa giriira wansi w'emeeza obukunkumuka bw'abaana29N'amukoba nti Olw'ekigambo ekyo, weirireyo; dayimooni aviiree ku muwala wo. 30N'airayo mu nyumba iye, n'asanga omuwala ng'agalamiziibwe ku kitanda, no dayimooni ng'amuviireku.31Ate n'ava mu butundu ebye Tuulo, n'aiza n'abita mu Sidoni no wakati mu bitundu ebye Dekapoli n'atuuka ku nyanza ey'e Galiraaya. 32Ne bamuleetera omwigavu w'amatu, atatumula kusa, ne bamwegayirira okumuteekaku omukono gwe.33N'amutoola mu kibiina kyama, n'amuteeka engalo mu matu ge, n'afuuja amatanta n'amukwata ku lulimi; 34n'alinga waigulu mu igulu, n'asinda n'amukoba nti Efasa, kwe kugamba nti Zibuka. 35Amatu ge ne gazibuka n'enkolo y'olulimi lwe n'esumulukuka n'atumula kusa36N'abakuutira baleke okukoberaku muntu; naye nga bwe yeeyongeire okubakuutira, bwe beeyongeire einu kimu okukibunya. 37Ne bawuniikirira inu dala kitalo nga bakoba nti Byonabyona akolere kusa: aigula abaigavu b'amatu, era atumulya abasiru.
1Awo mu naku egyo, ebibiina bwe byayingire obungi ate, ne batabba na mere, n'ayeta abayigirizwa be n'abakoba nti 2Nsaasira ebibiina, kubanga atyanu enaku isatu nga bali nanze, so babula mere; 3bwe mbasiibula okwirayo nga basiibire enjala, bazirikira mu ngira; n’abandi bava wala. 4Abayigiriwa be ne bamwiramu nti Omuntu yasobola atya okwikutya abantu bano emigaati wano mu idungu?5N'ababuulya nti Mulina emigaati imeka? Ne bamukoba nti Musanvu. 6N'alagira ebibiina okutyama wansi: n'akwata emigaati omuanvu, ne yeebalya, n'amenyamu, n’awa abayigirizwa be, okugiteeka mu maiso gaabwe; ne bagiteeka mu maiso g'ekibiina.7Era babbaire balina obw'enyanza butono: n'abwebalya, n’alagira n'obwo okubuteeka mu maiso gaabwe. 8Ne balya ne baikuta, ne bakuŋaanya obukunkumuka bwasigairewo ebiibo musanvu. 9Babbaire ng'enkumi ina: n'abasiibula. 10Amangu ago n'asaabala mu lyato n'abayigirizwa be, n'aiza ku njuyi egy'e Dalumanusa.11Abafalisaayo ne bafuluma ne baiza, ne batanula okumusokaasoka, nga basagira gy'ali akabonero akava mu igulu, nga bamukema. 12N'asinda inu mu mwoyo gwe, n’akoba nti ab'Emirembe gino basagira ki akabonero? mazima mbakoba nti ab'Emirembe gino tebaliweebwa kabonero. 13N'abaleka, n'asaabala ate n'agenda emitala w'edi.14Awo ne beerabira okutwala emigaati, so tebabbaire nagyo mu lyato wabula omugaati gumu. 15N'aakuutira ng'abakoba nti Mugume, mwekuume ekizimbulukusya eky'Abafalisaayo n’ekizimbulukusya kya Kerode.16Ne beebuulagana bonka na bonka, ne bakoba nti mubula migaati. 17Yesu bwe yategeire n'abakoba nti Kiki ekibeebuulyaganya olw'obutabba na migaati? Mukaali, so temutegeera? emyoyo gyanyu mikakayavu?18Mulina amaiso, temubona? mulina amatu, temuwulira? temwijukira? 19Bwe nameyeire enkumi eitaanu emigaati etaano, ebiibo bimeka ebyaizwire obukunkumuka bye mwakuŋanyirye? Ne bamukoba nti Ikumi na bibiri.20Era bwe namenyeire omusanvu enkumi eina, mwakuŋaanyire ebisero bimeka ebyaizwire obukunkumuka? Ne bamukoba nti Musanvu. 21N'abakoba nti Mukaali kutegeera?22Ne baiza ne batuuka mu Besusayida ne bamuleetera omuduka w'amaiso, ne bamwegayirira okumukwataku. 23N'akwata omuduka w'amaiso ku mukono, n'amufulumya ewanza w'embuga; awo bwe yafujire amatanta ku maiso ge, n'amuteeka engalo, n'amubuulya nti Oliku ky'obona?24N'alinga waigulu, n'akoba nti Bbe abantu, kubanga mbona bafaanana ng'emisaale nga batambula. 25Ate n'amuteeka engalo ku maiso ge n'akodola okubona, n'awona, n'abona byonabyona kusa. 26N'amusindika ewuwe, ng'amukoba nti Toyingiranga mu mbuga muno.27Yesu n'asitula n'ayaba n'abayigirizwa be mu mbuga gy'e Kayisaliya ekya Firipo. Bwe baatuukire mu ngira n'abuulya abayigirizwa be, n'abakoba nti Abantu banjeta yani? 28Ne bamukoba nti Yokaana Omubatiza: n'abandi nti Eriya: naye abandi nti Omumu ku banabbi.29Iye n'ababuulya nti Naye imwe munjeita yani? Peetero n'airamu n'amukoba nti niiwe Kristo. 30N'abakomaku baleke okubuuliraku omuntu ebigambo bye.31N'atandika okubegeresya nti kimugwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakaire, na bakabona abakulu, n'abawandiiki, n'okwitibwa, n'okubitawo enaku isatu okuzuukira. 32N'atumula ekigambo ekyo mu lwatu. Peetero n'amutwala, n'atandika okumuneya.33Naye n'akyuka, n'abona abayigirizwa be, n'anenya Peetero, ng'akoba nti ira enyuma wange, Setaani: kubanga tolowooza bya Katonda, wabula eby'abantu. 34N'ayeta ebibiina n'abayigirizwa be, n'abakoba nti Omuntu bw'ataka okunsengererya, yeefiirize yenka, yeetikke omusalaba gwe, ansengererye.35Kubanga buli ataka okulokola obulamu bwe alibugotya; na buli aligotya obulamu bwe ku lwange n'olw'enjiri alibulokola. 36Kubanga kimugasa ki omuntu okulya ensi gyonagyona, n'okufiirwa obulamu bwe? 37Kubanga omuntu yandiwaireyo ki okununula obulamu bwe?38Kubanga buli ankwatirwa ensoni nze n'ebigambo byange mu mirembe gino egy'obwenzi era emibbiibi, n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensoni oyo lw'aliizira mu kitiibwa kya Iitaaye na bamalayika abatukuvu.
1N'abakoba nti Mazima mbakoba nti Ku bano abemereire wano waliwo abamu abatalirega ku kufa n'akatono; okutuusia lwe balibona obwakabaka bwa Katonda nga bwiza n'amaani. 2Awo enaku omukaaga bwe gyabitirewo Yesu n'atwala Peetero no Yakobo no Yokaana, n'ayaba nabo ku lusozi oluwanvu bokka mu kyama: n'akyuusibwa mu maiso gaabwe. 3Engoye gye ne gyakaayakana ne gitukula inu; so nga wabula mwozi ku nsi ayinza okugitukulya atyo.4Awo Eriya no Musa ne baboneka; era babbaire batumula no Yesu. 5Peetero n'airamu, n'akoba Yesu nti Labbi, niikyo ekisa ife okubba wano; kale tusiisire ensiisira isatu; eimu yiyo, n'eimu ya Musa, n'eimu ya Eriya. 6Kubanga yabbaire tamaite ky'eyairamu; kubanga babbaire batiire inu.7Awo ekireri ne kiza ne kibasiikirizia; eidoboozi ne lifuluma mu kireri nti Ono niiye Mwana wange omutakibwa: mumuwulire. 8Bwe baakebukire amangu ago, ne batabona muntu ate wabula Yesu yenka nabo.9Awo bwe babbaire baika ku lusozi, n'abakuutira baleke okukoberaku omuntu bye baboine, okutuusia Omwana w'omuntu lw'alizuukira mu bafu. 10Ne bakyekuuma ekigambo ekyo nga beebuuzaganya bonka nti Okuzuukira mu bafu kulibba kutya?11Ne bamubuulya nga bakoba nti Abawandiiki batumula nti kigwana Eriya okusooka okwiza. 12N'abakoba nti Eriya y'asookere okwiza, n'alongoosa byonabyona: era kyawandiikiirwe kitya Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi n'okunyoomebwa? 13Naye mbakoba nti Eriya yamalire okwiza, era baamukolere buli kye batakire, nga bwe kyamuwandiikiirwe14Awo bwe baatuukire eri abayigirizwa be, ne babona ekibiina kinene nga kibeetooloire, n'abawandiiki nga babasokaasoka. 15Amangu ago ekibiina kyonakyona bwe kyamuboine, ne beewuunya inu, ne bairuka gy'ali ne bamusugirya. 16N'ababuulya nti Mubasokaasoka lwaki?17Omumu mu kibiina n'amwiramu nti Omwegeresya, nkuleeteire omwana wange, aliku dayimooni atatumula; 18buli gy'amutwala, amukubba ebigwo; abimba eiyovu, aluma amainu, akonvuba: nkobere abayigirizwa bo bamubbinge; ne batasobola. 19N'abairamu, n'akoba nti Imwe ab'emirembe egitaikirirya, ndituusa waaina okubba naimwe? ndituusa waina okubagumiinkiriza? mumundeetere.20Ne bamuleeta gy'ali: awo bwe yamuboine, amangu ago dayimooni n'amutaagulataagula inu; n'agwa wansi, ne yeekulungula, ng'abbimba eiyovu. 21N'abuula itaaye nti Obulwaire buno kasookedde bumukwata ibbanga ki? N'akoba nti Bwo mu butobuto. 22Emirundi mingi ng'amusuula mu musyo ne mu maizi okumwita: naye oba ng'oyinza, tusaasire, otubbeere23Yesu n'amukoba nti Oba ng'osobola! byonabyona bisoboka eri aikirirya. 24Amangu ago itaaye w'omwana n'atumulira waigulu, n'akoba nti Ngikirirya: saasira obutaikirirya bwange. 25Awo Yesu bwe yaboine ng'ekibiina kikuŋaana mbiro, n'aboggolera dayimooni, n'amugamba nti Iwe dayimooni atatumula, era omwigavu w'amatu, nze nkulagira, muveeku, tomwiriranga ate n'akatono.26Awo n'akunga, n'amutaagula inu, n'amuvaaku; n'afaanana ng'afiire; n'okukoba abandi bangi ne bakoba nti Afiire. 27Naye Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyimusia; n'ayemerera.28Awo bwe yayingiire mu nyumba, abayigirizwa be ne bamubuulya mu kyama nti Ife tetwasoboire kumubbinga. 29N'abakoba nti Engeri eno tekisoboka kuvaaku lw'e kigambo wabula olw'okusaba.30Ne bavaayo, ne babita mu Galiraaya, n'atataka muntu yenayena kutegeera. 31Kubanga yayegereserye abayigirizwa be n'abakoba nti Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abantu, balimwita; kale bw'alimala okwitibwa, era walibita enaku isatu n'azuukira. 32Naye tebaategeire kigambo ekyo, ne batya okumubuulya.33Ne batuuka e Kaperunawumu: awo bwe yabbaire ng'ali mu nyumba n'ababuuza nti Mubabbaire muwakana ki mu ngira? 34Naye ne basirika: kubanga babbaire bawakana bonka na bonka mu ngira nti yani omukulu. 35N'atyama, n'ayeta eikumi n'ababiri, n'abakoba nti Omuntu bw'ataka okubba ow'oluberyeberye, yaabbanga ku nkomerero ya bonabona, era muweereza wa bonabona.36N'akwata omwana omutomuto, n'amwemererya wakati mu ibo: awo n'amuwambaatira n'abakoba nti 37Buli eyaikiriryanga omumu ku baana abatobato abaliŋanga ono, mu liina lyange, ng'aikirirye nze: na buli muntu yenayena anjikirirya nze, taikirirya nze, wabula odi eyantumire.38Awo Yokaana n'amukoba nti Omuyigiriza, twaboine omuntu ng'abbinga dayimooni mu liina lyo; ne tumugaana, kubanga teyabitire naife. 39Naye Yesu n'akoba nti Temumugaananga: kubanga wabula muntu ayakolanga eky'amagero mu liina lyange ate amangu ago n'anvuma.40Kubanga atali mulabe waisu ng'ali ku lwaisu. 41Kubanga buli muntu eyabanywisyanga imwe ekikompe ky'amaizi kubanga muli ba Kristo, mazima mbakoba nti talibulwa mpeera ye n'akatono.42Na buli muntu eyesitalyanga omumu ku abo abatobato abanjikirirya, waakiri oyo okusibibwa olubengo olunene mu ikoti lye asuulibwe mu nyanza. 43Omukono gwo bwe gukwesitazianga, ogutemangaku; waakiri iwe okuyingira mu bulamu, ng'obulaku ekitundu, okusinga okwaba mu Geyeena ng'olina emikono gyombiri, mu musyo ogutalikira; 44eigino lyayo gye ritafiira so n'omusyo tegulikira.45N'okugulu kwo bwe kukwesitalyanga, okutemangaku: waakiri iwe okuyingira mu bulamu ng'obulaku okugulu, okusinga okusuulibwa mu Geyeena, ng'olina amagulu gombiri; 46eigino lyayo gyeri tefiira so n'omusyo tegulikira.47N'eriiso lyo bwe likwesitalyanga, olitoolangamu; waakiri iwe okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng'oli mu tulu, okusinga okusuulibwa mu Geyeena, ng'olina amaiso gombiri; 48eigino lyayo gyeri tefiira, so n'omusyo tegulikira.49Kubanga buli muntu alirungibwamu omusyo. 50Omunyu mulungi: naye omunyu bwe guwaamu ensa muliiryaamu ki? Imwe mubbe n'omunyu mukati mu imwe, mutabagane mwenka na mwenka.
1Awo n'agolokoka n'avaayo, n'aiza mu bitundu eby'e Buyudaaya n'emitala wa Yoludaani: ebibiina bingi ne bikuŋaanira w'ali ate; nga bwe yebityanga n'abegeresya ate. 2Awo Abafalisaayo ne baiza gy'ali, ne bamubuulya nti Kisa omuntu okubbinga mukali we? nga bamukema. 3Naye n'airamu n'abakoba nti Musa yabalagiire atya? 4Ne bakoba nti Musa yaikirirye okuwandiikanga ebbaluwa ey'okubbinga; kaisi abbingibwenga.5Naye Yesu n'abakoba nti Olw'obukakanyavu bw'emyoyo g'yanyu kyeyaviire abawandiikira eiteeka lino. 6Naye okuva ku luberyeberye lw'okutonda, yabatondere omusaiza n'omukazi.7Omuntu kyayavanga aleka itaaye no maye ne yeegaita no mukali we; 8boona bombiri baabanga omubiri gumu: kale nga tebakaali babiri ate, wabula omubiri gumu. 9Kale Katonda kye yagaitire awamu, omuntu takyawukanyanga.10Awo ate mu nyumba abayigirizwa ne bamubuulya ekigambo ekyo. 11N'abakoba nti Buli muntu yenayena eyabbinganga mukali we, n'akwa ogondi, ng'ayendere okumusobya; 12yeena mwene bweyanobanga ewa ibaaye, n'afumbirwa ogondi, ng'ayendere.13Awo ne bamuleetera abaana abatobato, okubakwataku: abayigirizwa be ne bajunga abaabaleetere. 14Naye Yesu bwe yaboine n'asunguwala, n'abakoba nti Mwikirirye abaana abatobato baize gye ndi; so temubagaana; kubanga abafaanana nga bano obwakabaka bwa Katonda niibwo bwabwe:15Mazima mbakoba nti Buli ataikiriryenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omutomuto, talibuyingiramu n'akatono. 16N'abawambaatira, n'abawa omukisa, ng'abateekaku emikono.17Bwe yabbaire ng'ayaba mu ngira, omu n'aiza gy'ali ng'airuka, n'amufukaamirira, n'amubuulya nti Omuyigiriza omusa, naakola ntya okusikira obulamu obutawawo? Yesu n'amukoba nti Onjetera ki omusa? wabula musa wabula omumu, niiye Katonda. 18Yesu n'amukoba nti Onjetera ki omusa? wabula musa wabula omumu, niiye Katonda. 19Omaite amateeka, Toitanga, Toyendanga, Toibbanga, Towaayirizanga, Tolyazaamaanyanga, Oteekangamu ekitiibwa itaawo no mawo.20N'amukoba nti Omuyigiriza, ebyo Byonabyona nabikwaite okuva mu butobuto bwange. 21Yesu bwe yamulingiriire n'amutaka, n'amukoba nti Oweebuukireku ekigambo kimu: yaba otunde byonabyona by'oli nabyo, ogabire abaavu, weena olibba n'obugaiga mu igulu: oize onsengererye. 22Naye n'atokooterera olw'ekigambo ekyo, n'ayaba ng'anakuwaire; kubanga yabbaire alina ebintu bingi.23Awo Yesu ne yeetooloolya amaiso, n'akoba abayigirizwa be nti Nga kizibu abagaiga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 24Abayigirizwa ne beewuunya ebigambo bye. Naye Yesu n'airamu ate, n'abakoba nti Abaana, nga kizibu abo abeesiga obugaiga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25Niikyo ekyangu eŋamiya okuyita mu nyindo y'empisio, okusinga omugaiga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.26Ne bawuniikirira inu, ne bamukoba nti Kale yani asobola okulokoka? 27Awo Yesu n'abalingirira n'akoba nti Mu bantu tekisoboka, naye tekiri kityo eri Katonda; kubanga byonabyona biyinzika eri Katonda. 28Awo Peetero n'atandika okumukoba nti Bona, ife twalekere byonabyona, ne tukusengererya.29Yesu n'amukoba nti Mazima mbakoba nti Wabula eyalekere enyumba, oba ab'oluganda, oba bainyina, oba maye, oba itaaye, oba abaana, oba ebyalo, ku lwange n'olw'enjiri, 30ataliweebwa emirundi kikumi mu biseera bino ebya atyanu, enyumba, n'ab'oluganda, ne bainyina na bamawabwe, n'abaana, n'ebyalo, n'okuyigganyizibwa; no mu mirembe egyaba okwiza obulamu obutawaawo. 31Naye bangi ab'oluberyeberye abalibba ab'oluvanyuma; n'ab'oluvanyuma abalibba ab'oluberyeberye.32Bwebabbaire mu ngira nga bambuka e Yerusaalemi; no Yesu yabbaire ng'abatangiire, ne beewuunya, na babbaire abasengererya ne batya: Awo ate n'atwala eikumi n'ababiri, n'atandika okubabuulira ebigambo ebyaba okumubbaaku, nti 33Bona, twambuka e Yerusaalemi; Omwana w'omuntu aliweebwayo eri bakabona abakulu n'abawandiiki; balimusalira omusango okumwita, balimuwaayo eri ab'amawanga: 34balimuduulira, balimufujira amatanta, balimukubba, balimwita; bwe walibitawo enaku eisatu alizuukira.35Awo Yakobo no Yokaana, abaana ba Zebbedaayo, ne basembera w'ali, ne bamukoba nti Omuyigiriza, tutaka otukolere kyonakyona kye twakusaba. 36N'abakoba nti Mutaka mbakolere ki? 37Ne bamukoba nti Tuwe tutyame, omumu ku mukono gwo omuliiro, n'ogondi ku mukono gwo omugooda, mu kitiibwa kyo.38Naye Yesu n'abakoba nti Temumaite kye musaba. Musobola okunywa ku kikompe kye nywaku nze? oba okubatizibwa n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze? 39Ne bamukoba nti Tusobola. Yesu n'abakoba nti Ekikompe nze kye nywaku mulinywaku; n'okubatiza kwe mbatizibwamu nze mulibatizibwa; 40naye okutyama ku mukono gwange omuliiro oba ku mugooda, ti niinze nkugaba, naye kw'abo be kwategekeirwe.41Awo eikumi bwe bawuliire, ne batandika okusunguwalira Yakobo no Yokaana. 42Yesu n'abeeta, n'abakoba nti Mumaite ng'abo abaalowoozebwa okufuga ab'amawanga babafugisya amaani; n'abakulu baabwe babatwala lwe mpaka.43Naye mu imwe tekiri kityo: naye buli ataka okubba omukulu mu imwe yabbanga muweereza wanyu; 44na buli ataka okubba ow'olubereberye mu imwe yabbanga mwidu wa bonabona. 45Kubanga mazima Omwana w'omuntu teyaizire kuweerezebwa, wabula okuweereza, n'okuwaayo obulamu bwe okununula abangi.46Awo ne batuuka e Yeriko: bwe yaviire mu Yeriko n'abayigirizwa be, n'ekibiina kinene, omwana wa Timaayo, Batiimaayo, omusabi omuduka w'amaiso, yabbaire atyaime ku mbali kwe ngira 47Awo bwe yawuliirwe nga Yesu Omunazaaleesi niiye oyo, n'atandika okutumulira waigulu n'okukoba nti Omwana wa Dawudi, Yesu, onsaasire. 48Bangi ne bamubogolera okusirika: naye ne yeeyongera inu okutumulira waigulu nti Omwana wa Dawudi, onsaasire:49Awo Yesu n'ayemerera n'akoba nti Mumwete. Ne beeta omuzibe w'amaiso, ne bamukoba nti Guma omwoyo; golokoka, akweta. 50Yeena n'asuula olugoye lwe, n'asituka, n'aiza eri Yesu.51Yesu n'amwiramu, n'akoba nti Otaka nkukole ntya? Omuduka w'amaiso n'amukoba nti Labooni, ntaka nzibule n'azibula, n'amusengererya mu ngira. 52Awo Yesu n'amukoba nti yaba; okwikirirya kwo kukuwonyerye. Amangu ago n'azibula, n'amusengererya mungira.
1Awo bwe babbaire balikumpi okutuuka e Yerusaalemi nga batuukire e Besufaage n'e Bessaniya, ku lusozi olwa Zeyituuni, n'atuma ku bayigirizwa be babiri, 2n'abakoba nti Mwabe mu mbuga ebali mu maiso: amangu ago bwe mwayingira omwo, mwabona omwana gw'endogoyi ogusibiibwe, oguteebagalwangaku muntu n'akatono; muguyimbule, muguleete. 3Omuntu bw'abakoba nti Mukola ki ekyo? mukoba nti Mukama waisu niiye agwetaaga; amangu ago yaguweererya eno.4Ne baaba, ne basanga omwana gw'endogoyi nga gusibiibwe ku mulyango ewanza mu luguudo; ne baguyimbula. 5Abamu ku abo ababbaire bemereire awo ne bakoba nti Mukola ki okuyimbula omwana gw'endogoyi? 6Ne babakoba nga Yesu bwe yabakobere: ne babaleka.7Ne baleeta omwana gw'endogoyi eri Yesu, ne bagusuulaku engoye gyabwe; n'agwebagala. 8Bangi ne baalirira engoye gyaabwe mu ngira; abandi ne baalirira amalagala g'emisaale, ge baatemere mu nimiro. 9Ababbaire batangiire n'ababbaire bava enyuma ne batumulira waigulu nti Ozaana; Aweweibwe omukisa aiza mu liina lya Mukama: 10Buweweibwe omukisa obwakabaka obwiza, obwazeiza waisu Dawudi: Ozaana waigulu einu.11N'atuuka ku Yerusaalemi n'ayingira mu yeekaalu; bwe yamalire okwetoolooza amaiso okubona byonabyona, obwire bwabbaire nga buwungeera, n'afuluma n'ayaba e Besaniya n'eikumi n'ababiri. 12Awo bwe bwakyeire amakeeri, bwe babbaire baviire mu Bessaniya n'alumwa enjala.13Awo bwe yalengeire omutiini oguliku abikoola n'agutuukaku, era koizi aboneku ekintu: awo bwe yagutuukireku, n'atabonaku kintu wabula ebikoola kubanga ti niibyo byabbaire ebiseera by'eitiini. 14N'airamu n'agukoba nti Okusooka atyanu Okutuusia emirembe n'emirembe omuntu talyanga ku bibala byo. Abayigirizwa be ne bawulira.15Awo ne batuuka e Yerusaalemi, n'ayingira mu yeekaalu n'asooka okubbinga ababbaire batunda n'abagulira mu yeekaalu, n'afuundika emeeza ez'abawaanyisia efeeza, n'entebe gy'abo ababbaire batunda amayemba; 16n'ataganya muntu okubitya ekibya mu yeekaalu.17N'ayegeresya, n'abakoba nti Tekyawandiikiibwe nti Enyumba yange yayetebwabwanga nyumba yo kusabirangamu amawanga gonagona? naye imwe mugifiire mpuku ya banyagi. 18Bakabona abakulu n'abawandiiki bwe baakiwuliire, ne basala amagezi bwe bamwita: kubanga baamutiire, kubanga ebibiina byonabyona baawuniikiriire olw'okwegeresya kwe. 19Awo buli kawungeezi yafulumanga mu kibuga.20Awo bwe bwakyeire amakeeri bwe babbaire nga babita, ne babona omutiini nga guviire ku kikolo okukala. 21Peetero bwe yaijukiire n'amukoba nti Labbi, bona, omutiini gwe wakolimiire gukalire.22Yesu n'airamu n'abakoba nti Mubbe n'okwikirirya mu Katonda. 23Mazima mbakoba nti Buli alikoba olusozi luno nti Sigulibwa; osuulibwe mu nyanza; nga tabuusiabuusia mu mwoyo gwe naye ng'aikirirya nga kyatumula kikolebwa, alikiweebwa.24Kyenva mbakoba nti Ebigambo byonabyona bye musaba n'okwegayirira, mwikirirye nga mubiweweibwe, era mulibifuna. 25Awo bwe mwayemereranga nga musaba, musonyiwenga, bwe mubbanga n'ekigambo ku muntu; no itaaye ali mu igulu abasonyiwe ebyonoono byanyu. 26Naye bwe mutasonyiwa, era ne Itawanyu ali mu igulu talisonyiwa byonoono byanyu.27Ate ne batuuka e Yerusaalemi; awo bwe yabbaire ng'atambula mu yeekaalu, ne baiza w'ali bakabona abakulu n'abawandiiki n'abakaire; 28ne bamukoba nti Buyinza ki obukukozesia bino? Oba yani eyakuwaire obuyinza buno okukola bino?29Awo Yesu n'abakoba nti Naye kambabuulye imwe ekigambo kimu, mungiremu, nzeena nabakobera imwe obuyinza bwe buli obunkozesia bino. 30Okubatiza kwa Yokaana kwaviire mu igulu, obs mu bantu? mungiremu.31Ne beebuulyagana bonka na bonka nga bakoba nti Bwe twamukba nti Kwaviire mu igulu; yatukoba nti Kale kiki ekyabalobeire okumwikirirya? 32Naye bwe twamukoba nti Kwaviire mu bantu - baatiire abantu; kubanga bonabina baalowooza mazima Yokaana okubba nabbi. 33Ne bairamu Yesu, ne bamukomba nti Tetumaite. Yesu n'abakoba nti Era nzeena timbakobere obuyinza bwe buli obunkozesia bino.
1N'atandiika okutumula nabo mu ngero. Omuntu yasimbire olusuku lw'emizabbibu, n'alusibaku olukomera, n'asimamu eisogolero, n'azimbamu ekigo, n'alupangisiamu abalimi, n'atambula mu nsi egendi. 2Awo omwaka bwe gwatuukire n'atuma omwidu eri abalimi, abalimi bamuwe ebibala by'emizabbibu gye. 3Ne bamukwata, ne bamukubba, n'airayo ngalo njereere.4Ate n'abatumira omwidu ogondi, oyo ne bamwasia olubale, ne bamuswaza. 5N'atuma ogondi; oyo ne bamwita: n'abandi bangi; abamu nga babakubba, abandi nga babaita.6Yabbaire ng'alina omumu, omwana omutakibwa: oluvanyuma n'amutuma gye babbaire, ng'akoba nti Bateekamu ekitiibwa omwana wange. 7Naye abalimi badi ne bakobagana bonka na bonka nti Ono niiye musika, kale tumwite, n'obusika bulibba bwaisu.8Ne bamukwata, ne bamwita, ne bamusuula ewanza w'olusuku lw'emizabbibu. 9Kale alibakola atya omwene w'olusuku lw'emizabbibu? Aliiza alizikirirya abalimi, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa bandi.10Temusomanga n'akatono ekyo ekyawandiikiibwe nti Eibbaale abazimbi lye baagaine, Eryo lyafuuliibwe omutwe ogw'oku nsonda: 11Ekyo kyaviire eri Mukama, Era kye kitalo mu maiso gaisu? 12Ne basala amagezi okumukwata; ne batya ebibiina: kubanga baategeire ng'agereire ku ibo olugero olwo: ne bamuleka, ne baaba.13Ne batuma gy'ali ab'omu Bafalisaayo n'Abakerodiyaani okumutega mu bigambo. 14Awo bwe baizire, ne bamukoba nti Omwegeresya, timaite iwe ng'oli wa mazima, so ebigambo by'omuntu yenayena tobiteekaku mwoyo: kubanga tososola mu bantu, naye oyegeresya ngira ya Katonda mu mazima: kale kisa okuwanga Kayisaali omusolo, oba ti niiwo awo? 15Tuwengayo, oba tetuwangayo? Naye bwe yategeire obunanfuusi bwabwe, n'akoba nti Munkemera ki? Mundeetere edinaali, ngibone.16Ne bagireeta. N'abakoba nti Ekifaananyi kino n'obuwandiikeku buno by'ani? Ne bamugamba nti Bya Kayisaali. 17Yesu n'abakoba nti Ebya Kayisaali mumuwenga Kayisaali, n'ebya Katonda mumuwenga Katonda. Ne bamwewuunya inu.18Awo Abasadukaayo, abakoba nti wabula kuzuukira, ne baiza w'ali; ne bamubuulya ne bakoba nti 19Omwegeresya, Musa yatuwandiikiire nti Mugande w'omuntu bw'afanga, n'aleka omukali we, nga talekere mwana, omugande atwalanga mukali we, n'ateekerawo mugande eizaire.20Kale waaliwo ab'oluganda musanvu: ow'oluberyeberye n'akwa omukali, n'afa, n'atalekaawo izaire; 21ow'okubiri n'amuwasa n'afa, era yeen n'atalekaawo izaire; n'ow'okusatu atyo: 22bonabona omusanvu ne batalekaawo eizaire. Oluvannyuma bonabona nga baweirewo n'omukali n'afa. 23Kale bwe balizuukira alibba mukali wani ku bo? kubanga bonabona omusanvu bamukweire.24Yesu n'abakoba nti Ti niikyo kyemuva mukyama nga temumaite ebyawandiikibwa waire amaani ga Katonda? 25Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebalikwa, so tebalibayirya; naye balibba nga bamalayika ab'omu igulu.26Naye eby'abafu okuzuukizibwa; temusomanga mu kitabo kya Musa ku Kisaka, Katonda bwe yamubuuliire ng'agamba nti Nze ndi Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo? 27Ti Katonda wa bafu, naye wa balamu: mukyama inu.28Awo omumu ku bawandiiki n'aiza n'awulira nga beebuulyagana bonka na bonka, n'amanya ng'abairireemu kusa, n'amubuulya nti Iteeka ki ery'oluberyeberye ku gonagona? 29Yesu n'airamu nti Ery'oluberyeberye niilyo lino nti Wulira Isiraeri; Mukama Katonda waisu, Mukama niiye omumu; 30era takanga Mukama Katonda wo n'omwoyo gwo gwonagwona, n'obulamu bwo bwonabwona, n'amagezi go gonagona, n'amaani go gonagona. 31Ery'okubiri niilyo lino nti Takanga muliraanwa wo nga bwe wetaka wenka. Wabula iteeka lindi erisinga ago obukulu.32Omuwandiiki n'amukoba nti Mazima, Omwegeresya, otumwire kusa nga Katonda ali mumu so wabula gondi wabula iye: 33n'okumutaka n'owoyo gwonagwona, n'okutegeera kwonakwona, n'amaani gonagona, n'okutaka muliraanwa wo nga bwe wetaka wenka kusinga inu ebiweebwayo byonabyona ebiramba ebyokebwa ne sadaaka. 34Awo Yesu bwe yaboine ng'amwiriremu ng'omutegeevu, n'amukoba nti Toli wala n'obwakabaka bwa Katonda. Awo ne watabba muntu ayaŋanga okumubuulya ate.35Yesu n'airamu n'akoba ng'ayegeresya mu yeekaalu nti Abawandiiki ekikobya ki nti Kristo mwana wa Dawudi? 36Dawudi mwene yakobere mu Mwoyo Omutukuvu nti Mukama yakobere Mukama wange nti Tyama ku mukono gwange omuliiro, Okutuusia lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo. 37Dawudi mwene amweta Mukama we, abba atya omwana we? Ab'omu kibiina ne bamuwulira n'eisanyu.38Awo mu kwegeresya kwe n'abakoba nti Mwekuume Abawandiiki abataka okutambula nga bavaire engoye empanvu, n'okubasugirya mu butale, 39n'entebe egy'oku mwanjo mu makuŋaaniro n'ebifo eby'ekitiibwa mu mbaga; 40abalya enyumba gya banamwandu, era abasaba einu mu bunanfuusi; abo balikola omusango ogusinga obunene.41N'atyama okwolekera eigwanika, n'abona ebibiina bwe bisuula efeeza mu igwanika: bangi ababbaire abagaiga abaswiremu ebingi. 42Awo namwandu omumu omwavu n'aiza, n'asuulamu ebitundu bibiri, ebye kodulante.43N'ayeta abayigirizwa be, n'abakoba nti Mazima mbakoba nti Namwandu ono omwavu aswiremu bingi okusinga bonabona abasuula mu igwanika: 44kubanga bonabona baswiremu ku bibafikire; naye oyo mu kwetaaga kwe aswiremu byonabyona by'ali nabyo; niibwo bulamu bwe bwonabwona.
1Awo bwe yafulumire mu yeekaalu, omumu ku bayigirizwa be n'amukoba nti Omwegeresya, bona, amabbaale gano bwe gali, n'enzimba eno bw'eri. 2Yesu n'amukoba nti Obona enzimba eno enene? teririrekebwa wano eibbaale eriri ku ibbaale eritalisuulibwa wansi.3Bwe yabbaire atyaime ku lusozi olwa Zeyituuni ng'ayolekeire yeekaalu, Peetero no Yakobo n Yokaana no Andereya ne bamubuulya mu kyama nti 4Tukobere, ebyo biribbaawo di? n'akabonero ki ak'ebyo nga byaaba okutuukirizibwa byonabyona?5Yesu n'asooka okubakoba nti Mwekuume, omuntu yenayena tabagotyanga. 6Bangi abaliiza mu liina lyange nga batumula nti Niinze oyo; era baligotya bangi.7Awo bwe muwuliranga entalo n'eitutumu ly'entalo; temweraliikiriranga: kibigwanira okubaawo; naye enkomerero ng'ekaali. 8Kubanga eigwanga lirirumba eigwanga liinaye, n'obwakabaka obw'akabaka bwinaabwe: walibbaawo ebikankanu mu bifo bingi; walibaawo enjala: ebyo niilwo luberyeberye lw'okulumwa.9Naye mwekuume mwenka: kubanga balibawaayo mu nkiiko: mulikubbirwa no mu makuŋaaniro; era mulyemerera mu maiso g'abaamasaza na bakabaka ku lwange, okubba abajulizi mu ibo. 10Enjiri kigigwanira okumala okubuulirwa amawanga gonagona.11Era bwe babatwalanga okubawaayo, temusookanga kweraliikirira bwe mwatumula: naye kyonakyona kye muweebwanga mu kiseera ekyo, ekyo kye mutumulanga, kubanga ti niimwe mutumula, wabula Omwoyo Omutukuvu. 12Ow'oluganda yawangayo mugande okumwita, ni itaaye w'omwana yamuwangayo; abaana bajeemeranga ababazaire, babaitisyanga. 13Mwakyayibwanga bonabona olw'eriina lyange: naye agumiinkiriza okutuusia enkomerero oyo niiye alirokoka.14Naye bwe mulibona eky'omuzizo ekizikiririzia nabbi Danyeri kye yatumwireku nga kyemereire awatakisaanira (asomamu ategeere), kale abali mu Buyudaaya bairukire ku nsozi; 15ali waigulu ku nyumba taikanga, so tayingiranga kutoolamu kintu mu nyumba ye: 16n'ali mu lusuku tairanga kutwala lugoye lwe.17Naye giribasanga abali ebida; n'abayokya mu naku egyo. 18Musabe bireke okutuukira mu biseera eby'empewo. 19Kubanga enaku egyo giribba gyo kuboneramu naku, nga tegibbangawo giti kasookede Katonda atonda ebyatondeibwe okutuusia atyanu, so tegiribba. 20So singa Mukama teyasalire ku naku egyo, tewandirokokere mubiri gwonagwona: naye olw'abalonde be yalondere yagisalireku enaku.21Mu biseera ebyo omuntu bw'abakobanga nti Bona, Kristo ali waano; oba ali eyo; temwikiriryanga: 22kubanga bakristo ab'obubbeyi na banabbi ab'obubbeyi baliyimuka, balikola obubonero n'ebyewuunyo, okugotya, oba nga kisoboka abalonde. 23Naye mwekuume imwe: bona, mbakobeire byonabyona nga bikaali kubbaawo.24Naye mu nnaku egyo, okubona enaku okwo nga kuweire, eisana lirizikizibwa n'omwezi tegulyaka musana gwagwo, 25n'emunyenye giribba nga gigwa okuva mu igulu, n'amaani ag'omu igulu galitengera. 26Kale kaisi ne babona Omwana w'omuntu ng'aizira mu bireri n'amaani amangi n'ekitiibwa. 27Awo kaisi n'atuma bamalayika be, alikuŋaanya abalonde be okuva mu mpewo eina okuva ku nkomerero y'ensi okutuusia ku nkomerero y'eigulu.28Era mwegere ku mutiini olugero lwagwo: eitabi lyagwo bwe ligeiza n'ebikoola ne bitojera mutegeera ng'omwaka guli kumpi 29era mweena mutyo, bwe mwabonanga ebyo nga bituukire; mutegeere ng'ali kumpi, ku lwigi.30Mazima mbakoba nti Emirembe gino tegiriwaawo n'akatono okutuusia ebyo byonabyona lwe birituukirira. 31Eigulu n'ensi biriwaawo, naye ebigambo byange tebiriwaawo n'akatono. 32Naye eby'olunaku olwo oba ekiseera ekyo wabula amaite, newaire bamalayika abali mu igulu, waire Omwana, wabula Iitawange.33Mwekuumenga, mumogenga, musabenga: kubanga temumaite biseera we birituukira. 34Ng'omuntu eyalekere enyumba ye n'atambula mu nsi egendi ng'awaire abaidu be obuyinza, buli muntu omulimu gwe n'alagira omwigali okumoga.35Kale mumoge: kubanga temumaite mukama w'enyumba w'aliizira, oba lweigulo, oba itumbi, oba ng'enkoko ekolyooka, oba makeeri; 36atera okwiza mangu ago n'abasanga nga mugonere. 37Era kye mbakoba imwe mbakoba bonabona nti Mumoge.
1Awo bwe wabbaire wakaali wabulayo enaku ibiri, embaga y'Okubitaku n'emigaati egitazimbulukusibwa etuuke: bakabona abakulu n'abawandiiki ne basala amagezi bwe bamukwata mu lukwe n'okumwita: 2kubanga bakobere nti Ti ku lunaku lwe mbaga, koizi waleke okubbawo akeegugungu mu bantu.3Awo bwe yabbaire mu Besaniya mu nyumba ya Simooni omugenge, ng'atyame ku mere, omukali eyabbaire ne eccupa ey'amafuta ag'omusita ogw'omuwendo omungi einu n'aiza, n'ayasa eccupa, amafuta n'agafuka ku mutwe gwe. 4Naye wabbairewo mu ibo abamu abasunguwaire nga bakoba nti Amafuta gafiriire ki gatyo? 5Kubanga amafuta gano bandisoboire okugatundamu eddinaali ebikumi bisatu n'okusingawo n'okugabira abaavu. Ne bamwemulugunyilya.6Naye Yesu n'agamba nti Mumuleke; mumunakuwalilya ki? ankoleire ekikolwa ekisa. 7Kubanga abaavu ibo muli nabo buliijo; na buli lwe mutaka musobola okubakola okusa: naye nze temuli nanze buliijo. 8Akolere nga bw'asoboire: asookere okufuka amafuta ku mubiri gwange nga bukali okunziika. 9Mazima mbakoba nti Enjiri buli gy'eyabuulirwanga mu nsi gyonagyona, n'ekyo omukali ono ky'akolere kyamutumulwangaku okumwijukira.10Awo Yuda Isukalyoti, eyabbaire omumu ku ikumi n'ababiri, n'ayaba eri bakabona abakulu; okumuwaayo gye bali: 11Awo bwe baawuliire, ne basanyuka, ne basuubiza okumuwa efeeza. N'asala amagezi bw'ayabona eibbanga okumuwaayo.12Awo ku lunaku olwasookere olw'emigaati egitazimbulukusibwa lwe baita Okubitaku, abayigirizwa be ne bamukoba nti Otaka twabe waina tutegeke gy'ewaliira Okubitaku? 13N'atuma ab'oku bayigirizwa be babiri, n'abakoba nti Mwabe mu kibuga, yasisinkana naimwe omusaiza nga yeetikire ensuwa y'amaizi: mumusengererye; 14yonayona mweyayingira mumukobe mweene we nyumba nti Omwegeresya akobere nti Enyumba eri waina mwe naaliira Okubitaku n'abayigirizwa bange?15Yabalaga iye mwene enyumba enene eya waigulu eyaliriibwe etegekeibwe: mututegekere omwo. 16Awo abayigirizwa ne bagenda ne baiza ku kibuga, ne babona nga bwe yabakobere: ne bategeka Okubitaku.17Awo bwe bwawungeereire n'aiza n'eikumi n'ababiri. 18Awo bwe babbaire batyaime ku mere, Yesu n'akoba nti Mazima mbakoba nti Omumu ku imwe alya nanze eyandyamu olukwe; 19ne batandika okunakuwala n'okumukoba mumu ku mumu nti Niiye nze?20N'abakoba nti omumu ku ikumi n'ababiri akozia nanze mu kibya niiye oyo. 21Kubanga Omwana w'omuntu ayaba nga bwe kyamuwandiikweku: naye girimusanga omuntu oyo alyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibbaire kisa eri oyo singa teyazaaliibwe omuntu oyo.22Awo bwe babbaire balya, n'atoola omugaati, awo bwe yamaliriire okwebalya n'agumenyamu, n'abawa, n'akoba nti Mutoole; guno niigwo omubiri gwange. 23N'akwata ekikompe, awo bwe yamalire okweyanzia, n'abawa; ne bakinywaku bonabona. 24N'akoba nti Guno niigwo musaayi gwange ogw'endagaanu, oguyiika olw'abangi. 25Mazima mbakoba nti Tindinywa ate ku bibala ku muzabbibu, okutuusia ku lunaku ludi lwe ndigunywa omuyaka mu bwakabaka bwa Katonda.26Awo bwe baamalire okwemba olwembo, ne bafuluma ne baaba ku lusozi olwa Zeyituuni. 27Awo Yesu n'abakoba nti Mwesitala mwenamwena: kubanga kyawandiikiibwe nti Ndikubba omusumba, n'entama girisaansaana.28Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibatangira okwaba mu Galiraaya. 29Naye Peetero n'amukoba nti waire nga bonabona besitala, naye ti niinze.30Yesu n'amukoba nti Mazima nkukoba nti iwe atyanu, obwire buno, enkoko eneeba akaali kukolyooka emirundi ebiri, waneegaana emirundi isatu. 31Naye ne yeeyongera inu okutumula nti waire nga kiŋwaniire okufiira awamu naiwe, tinkwegaane n'akatono. Era bonabona ne bakoba batyo.32Awo ne baiza mu kifo eriina lyakyo Gesusemane: n'akoba abayigirizwa be nti Mutyame wano male okusaba. 33N'atwala Peetero no Yakobo no Yokaana wamu naye, n'atandiika okuwuniikirira n'okweraliikirira einu. 34N'abakoba nti Emeeme yange eriku enaku nyingi, gyaba kungita: mubbe wano, mumoge.35N'atambulaku katono, n'avuunama n'asaba, oba nga kisoboka, ekiseera kimubiteku. 36N'akoba nti Aba, Itawange, byonabyona bisoboka gy'oli; ntolaku ekikompe kino; naye ti nga nze bwe ntaka, wabula nga iwe bw'otaka.37Awo n'aiza, n'abasanga nga bagonere, n'akoba Peetero nti Simooni, ogonere? tobbaire na maani ag'okumoga n'esaawa eimu eti? 38Mumoge, musabe, muleke okuyingira mu kukemebwa: omwoyo igwo gutaka, naye omubiri igwo munafu. 39Ate n'airayo, n'asaba, n'atumula ebigambo bimu na bidi.40N'airawo ate, n'abasanga nga bagonere, kubanga amaiso gaabwe gabbaire gakambaga inu; so tebaamanyire bwe banaamwiramu. 41N'aiza omulundi ogw'okusatu, n'abakoba nti Mugonere dala atyanu, muwumule: kyamala; ekiseera kituukire; bona, Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abalina ebibbiibi. 42Musituke, twabe; bona, andyamu olukwe alikumpi okutuuka okutuuka.43Awo amangu ago, bwe yabbaire nga akaali atumula, Yuda, omumu ku ikumi n'ababiri, n'aiza n'ekibiina wamu naye abaalina ebitala n'emiigo, nga bava eri bakabona abakulu, n'abawandiiki n'abakaire. 44Era oyo eyamuliiremu olukwe yabbaire abawaire akabonero ng'akoba nti Oyo gwe nnaanywegera, nga niiye oyo; mumukwate, mumutwale nga mumunywezerye. 45Awo bwe yatuukire, amangu ago n'aiza gy'ali n'akoba nti Labbi; n'amunywegera inu. 46Ne bamutekaku emikono gyabwe, ne bamukwata.47Naye omumu ku abo ababbaire bayemereire awo n'asowola ekitala, n'atema omwidu wa kabona asinga obukulu n'amusalaku okitu. 48Awo Yesu n'airamu n'abakoba nti Mungiziire nga bwe mwizira omunyagi; n'ebitala n'emiigo okunkwata? 49Buli lunaku nabbanga naimwe mu yeekaalu nga njegeresya, nga temwankwaite: naye kino kikoleibwe, ebyawandiikibwa bituukirire. 50Awo bonabona ne bamwabulira ne bairuka.51Awo omulenzi omumu n'amusengererya, eyabbaire yebikiriire olugoye olw'ekitaani lwonka ku mubiri: ne bamukwata; 52naye n'abalekera olugoye olw'ekitaani, n'airuka bwereere.53Awo ne batwala Yesu eri kabona asinga obukulu: ne bamukuŋaaniraku bakabona abakulu bonabona n'abakaire n'abawandiiki. 54Awo Peetero n'amusengererya wala, okutuuka mukati mu luya lwa kabona asinga obukulu; yabbaire atyaime n'abaweereza ng'ayota omusyo.55Awo bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonabona ne basagirira Yesu abajulizi ab'okumwitisya, so ne batababona: 56Kubanga abaamuwaayirizire eby'obubbeyi bangi, so n'okuwaayiriza kwabwe tekwabbaire kumu.57Awo abandi ne basituka ne bamuwaayiriza, nga bakoba nti 58Ife twamuwuliire ng'akoba nti Ndimenya yeekaalu eno eyakoleibwe n'emikono, no mu naku isatu ndizimba egendi etalikoleibwe ne mikono. 59So n'okuwaayiriza kwabwe okwo kwona tekwabbaire kumu.60Awo kabona asinga obukulu n'ayemerera wakati, n'abuulya Yesu, ng'akoba nti Iwe toyiramu n'akatono? kiki kye bakulumirirya bano? 61Naye n'asirika busiriki, n'atabairamu n'akatono. Aate kabona asinga obukulu n'amukoba nti Niiwe Kristo, Omwana w'oyo eyeebazaliibwe? 62Yesu n'akoba nti Niinze ono; Mweena mubibona Omwana w'omuntu ng'atyaime ku mukono omuliiro ogw'amaani, ng'aiza n'ebireri eby'eigulu.63Awo kabona asinga obukulu n'akanula engoye gye, n'agamba nti Twetagira ki ate abajulizi? 64Muwuliire obuvooli bwe: mulowooza mutya? Bonabona ne bamusalira omusango ng'asaanira okufa. 65Awo abamu ne batyama okumufujira amatanta, n'okumubiika mu maiso, n'okumukubba ebikonde n'okumukoba nti Lagula: abaweereza ne bamutwala nga bamukubba empi.66Awo Peetero bwe yabbaire wansi mu luya, omumu ku bazaana ba kabona asinga obukulu n'aiza; 67awo bwe yaboine Peetero ng'ayota omusyo, n'amulingirira, n'akoba nti Weena wabbaire n'Omunazaaleesi, Yesu. 68Naye iye ne yeegaana ng'akoba nti Timaite, so tintegeera ky'otumula: n'ayaba ewanza mu kisasi; enkoko n'ekolyoka.69Awo omuzaana n'amubona, n'atadika ate okubakoba ababbaire bemereire awo nti Ono w'ewabwe. 70Naye ne yeegaana ate. Awo bwe wabitirewo ekiseera kitono, ababbaire bemereire awo ne bakoba Peetero ate nti Mazima oli w'ewabwe; kubanga oli Mugaliraaya.71Naye n'atandika okukolima n'okulayira nti Timaite muntu ono, gwe mutumulaku. 72Amangu ago enkoko n'ekolyoka omulundi ogw'okubiri. Awo Peetero n'aijukira ekigambo Yesu bwe yamukobeire nti Enkoko yabba nga Ekaali okukolyoka emirundi eibiri, wabba enegaine emirundi isatu. Kale bwe yalowoozerye, n'akunga amaliga.
1Awo amangu ago bwe bwakyeire amakeeri, bakabona abakulu N'abakaire n'abawandiiki n'ab'omu lukiiko bonabona ne bateesia, ne basiba Yesu, ne bamutwala, ne bamuwaayo eri Piraato. 2Awo Piraato n'amubuulya nti Niiwe Kabaka w'Abayudaaya? Bwe yayiriremu n'amugamba nti Niiwe otumwire. 3Awo bakabona abakulu ne bamuloopa ebigambo bingi.4Awo Piraato n'amubuuza nate, ng'agamba nti Tongiramu n'akatono? Bona ebigambo bingi bye bakuloopa. 5Naye Yesu n'atairamu ate kigambo; Piraato n'okwewuunya ne yeewuunya.6Awo ku mbaga yabalekuliranga omusibe mumu gwe basiibire. 7Awo wabbairewo mumu ayetebwa Balaba, eyasibiibwe n'abo abaajeemere abaitire abantu mu kujeema okwo. 8Awo ekibiina ne kiniina ne kitandika okumusaba okubakola nga bwe yabakolanga.9Awo Piraato n'abairamu, ng'akoba nti Mutaka mbalekulire Kabaka w'Abayudaaya? 10Kubanga yategeire nga bakabona abakulu baamuweeseryeyo iyali. 11Naye bakabona abakulu ne bamwesomera ekibiina nti Balaba gw'aba abalekulire.12Awo Piraato n'airamu ate n'abakoba, nti Kale naamukola ntya gwe mweta Kabaka w'Abayudaaya? 13Awo ne batumulira waigulu ate nti Mukomerere.14Awo Piraato n'abakoba nti Koizi kibbiibi ki ky'akolere? Naye ne batumulira inu outumulira waigulu nti Mukomerere. 15Awo Piraato bwe yabbaire ataka okusanyusa ekibiina, n'abalekulira Balaba, n'awaayo Yesu okukomererwa ng'amalire okumukubba.16Awo basirikale ne bamutwala mukati mu luya olwetebwa Pulayitoliyo; ne bayita ekitongole Kyonakyona okukuŋaana. 17Ne bamuvalisya olugoye olw'efulungu. Ne baluka engule ey'amawa ne bagimutikira; 18ne batandika okumusugirya nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya!19Ne bamukubba olugada mu mutwe, ne bamufujira amatanta, ne bafukamira, ne bamusinza. 20Awo bwe baamalire okumuduulira, ne bamwambulamu olugoye olw'efulungu, ne bamuvalisya engoye gye, ne bamutwala ne bamufulumya okumukomerera. 21Ne bawalirizia omuntu eyabbaire ayeta, Simooni ow'e Kuleene, ng'ava mu kyalo, Itaaye wa Alegezanda ne Luufo, okwaba nabo okwetika omusalaba gwe.22Ne bamuleeta mu kifo Gologoosa, okutegeezebwa kwakyo nti Kifo kya kiwanga. 23Ne bamuwa omwenge ogutabwirwemu envumbo: naye iye n'atagwikirirya. 24Awo ne bamukomerera, ne bagabana ebivaalo bye, nga babikubiraku obululu; buli muntu ky'eyatwala.25Awo essaawa gyabbaire isatu, ne bamukomerera. 26Awo ebbaluwa ey'omusango gwe n'ewandiikibwa waigulu nti KABAKA W'ABAYUDAAYA. 27Era n'abanyagi babiri ne babakomerera wamu naye; omumu ku mukono omuliiro, n'omulala ku mugooda 28Olwo ekyawandiikiibwe ne kituukirira, ekikoba nti N'abalirwa awamu n'abasobya:29Awo Ababbaire babita ne bamuvuma nga basisikya emitwe gyabwe, nga bakoba nti So, niiwe amenya yeekaalu n'ogizimbira enaku eisatu, 30weerokole, ove ku musalaba.31Era bakabona abakulu ne baduula batyo n'abawandiiki bonka na bonka ne bakoba nti Yalokoire bandi; tasobola kwerokola yenka. 32Kristo Kabaka wa Isiraeri ave atyanu ku musalaba, kaisi tubone twikirirye. Na badi abaakomereirwa naye ne bamuvuma.33Awo esaawa bwe gyabbaire giri mukaaga ne wabba endikirirya ku nsi yonayona okutuusia ku saawa ey'omwenda. 34Awo mu saawa ey'omwenda Yesu n'akunga n'eidoboozi inene nti Eroi, Eroi, lama sabakusaani? okutegeezebwa kwakyo nti Katonda wange, Katonda wange, kiki ekikundekeserye? 35Awo abamu ku abo ababbaire bayemereire awo bwe baawuliire ne bakoba nti bona, ayeta Eriya.36Awo omumu n'airuka, n'aiyinika ekisuumwa mu nvinyu enkaatuufu, n'akiteeka ku lugada, n'amuwa okunywa, ng'agamba nti Leka tubone nga Eriya yaiza okumuwanula. 37Awo Yesu n'akunga n'eidoboozi inene n'awaayo obulamu. 38Awo n'eijiji ly'omu yeekaalu ne rikanukamu wabiri, okuva waigulu okutuuka wansi.39Awo omwami w'ekitongole eyabbaire ayemereire awo ng'amwolekeire bwe yaboine ng'awaireyo obulamu atyo, n'akoba nti Mazima omuntu ono abaire Mwana wa Katonda. 40Era wabbairewo walaku abakali nga balengera: mu abo wabbairewo n Malyamu Magudaleene, ne Malyamu maye Yakobo omutomuto ne Yose, ne Saalome; 41abo bwe yabbaire mu Galiraaya niibo babitanga naye nga bamuweereza; n'abakazi abandi bangi abaaninire naye e Yerusaalemi.42Awo bwe bwawungeire, kubanga lwabbaire lunaku lwo Kuteekateeka, niilwo lunaku olusooka sabbiiti, 43Yusufu ow'e Alimasaya, omukulu ateesia ow'ekitiibwa, era eyasuubiranga mwene obwakabaka bwa Katonda; n'aguma n'ayingira eri Piraato nga tatya, n'asaba omulambo gwa Yesu. 44Awo Piraato ne yeewuunya bw'afiire amangu, n'ayeta omwami w'ekitongole n'amubuulya oba ng'ekiseera kibitirewo bwe yaakafiira.45Awo bwe yakiwuliire okuva eri omwami, n'awa Yusufu omulambo. 46Iye n'agula olugoye olw'ekitaani, n'amuwanula, n'amuzinga mu lugoye olw'ekitaani olwo, n'amuteeka mu ntaana eyasiimiibwe mu lwazi, n'ayiringisirya eibbaale ku mulyango gw'entaana. 47Malyamu Magudaleene no Malyamu maye wa Yose ne babona we yalekwirwe.
1Awo sabbiiti bwe yaweireku, Malyamu Magudaleene ne Malyamu maye wa Yakobo, ne Saalome ne bagula eby'akaloosa, baize bamusiige. 2Awo bwe bwakyeire amakeeri ku lunaku olusooka mu wiiki, eisana bwe lyabbaire lyakavaayo ne baiza ku ntaana.3Awo babbaire beebuulyagana bonka nti Yani eyatuyiringisirya eibbaale okulitoola ku mulyango gw'entaana? 4Awo bwe baalingiriire, ne babona eibbaale nga liyiringisibwe ku mbali; kubanga lyabbaire inene inu5Awo bwe baayingire mu ntaana, ne babona omulenzi ng'atyaime ku luuyi olwa muliiro, ng'avaire olugoye olutukuvu; ne bawuniikirira. 6N'abagamba nti Temuwuniikirira: musagira Yesu, Omunazaaleesi, eyakomereirwe: azuukiire; tali wano: bona, ekifo we baamuteekere. 7Naye mwabe, mubuulire abayigirizwa be no Peetero nti Abatangiire okwaba e Galiraaya. Eyo gye mulimubonera nga bwe yabakobere.8Ne bava ku ntaana nga bairuka mangu; kubanga okutengera n'okusamaalirira byabbaire bibakwaite: so ne batakoberaku muntu kigambo, kubanga batiire.9Awo bwe yamalire okuzuukira mu makeeri ku lunaku olw'oluberyeberye ku naku omusanvu n'asooka okubonekera Malyamu Magudaleene gwe yabbingireku dayimooni omusanvu. 10Oyo n'ayaba n'abuulira ababitanga naye, nga banakuwala nga bakaaba. 11Awo ibo, bwe baawuliire nga mulamu, ng'aboneibwe iye, ne bataikirirya.12Ebyo bwe byaweire n'abonekera bainaabwe babiri mu kifaananyi kindi, nga batambula nga baaba mu kyalo. 13Awo abo ne baaba ne babuulira badi abandi, so ne batabaikirirya.14Oluvanyuma n'abonekera eikumi n'omumu nga batyaime ku mere; n'abanenya olw'obutaikirirya n'obukakaayavu bw'emyoyo gyabwe, kubanga tebaikirirye abaamuboine ng'amalire okuzuukira: 15N'abakoba nti Mwabe mu nsi gyonagyona, mubuulire enjiri eri ebitonde byonabyona. 16Aikirirya n'abatizibwa, alirokoka, naye ataikirirya omusango gulimusinga.17Era obubonero buno bwayabanga n'abo abaikirirya: bagobanga emizimu mu liina lyange; batumulanga enimi egyaka; 18bakwatanga ku misota, bwe banywanga ekintu ekiita, tekyabakolenga kabbiibi n'akatono; bateekangaku emikono abalwaire, boona bawonanga.19Awo Mukama waisu Yesu bwe yamalire okutumula nabo, n'atwalibwa mu igulu, n'atyama ku mukono omulyo ogwa Katonda. 20Badi ne bafuluma, ne babuulira wonawona, Mukama waisu ng'akoleranga wamu nabo era ng'anywezia ekigambo mu bubonero obwakiriranga. Amiina.
1Bwe babbaire abangi abaatandika okuwandiika amakulu g'ebigambo ebyatuukiriziibwe mu ife, 2nga bwe baabitubuuliire, abo abaasookere okuva ku luberyeberye okubba abajulirwa era abaweereza b'ekigambo, 3awo bwe naliraanyizirye dala byonabyona okuva ku luberyeberye, era nzeena naboine nga kisa okukuwandiikira iwe, Teefiro omusa einu, nga bwe byaliraine; 4kaisi omanye amazima g'ebigambo bye wayegereseibwe.5Awo mu mirembe gya Kerode, kabaka We Buyudaaya, wabbairewo kabona, eriina lye Zaakaliya, wo mu lulyo lwa Abiya: era yabbaire n'omukali ow'omu bawala ba Alooni, eriina lye Erisabesi. 6N'abo bombiri babbaire batuukirivu mu maiso ga Katonda, nga batambulira mu biragiro byonabyona ne mu by'obutuukirivu ebya Mukama nga babulaku kabbiibi. 7So tebabbaire no mwana, kubanga Erisabesi yabbaire mugumba, boona bombiri babbaire bakairiwire mu myaka gyabwe.8Awo olwatuukire, bwe yabbaire ng'akola omulimu ogw'obwa kabona mu maiso ga Katonda ng'oluwu lwe bwe lwaliraine, 9awo akalulu ne kamugwaku ng'empisa ez'obwa kabona bwe gyabbaire okuyingira mu yeekaalu ya Mukama okwotererya obubaani. 10Awo ekibiina kyonakyona eky'abantu kyabbaire nga kisabira wanza mu kiseera eky'okwotereryamu.11Awo malayika wa Mukama n'amubonekera ng'ayemereire ku luuyi olw muliiro olw'ekyoto eky'okwotereryaku. 12Awo Zaakaliya bwe yamuboine ne yeeraliikirirya, n'atya. 13Naye malayika n'amugamba nti Totya, Zaakaliya; kubanga okwegayirira kwo kuwuliirwe, mukazi wo Erisabesi alikuzaalira omwana ow'obulenzi, olimutuuma eriina Yokaana.14Olisanyuka, era olijaguza, era bangi abalisanyukira okuzaalibwa kwe. 15Kubanga aliba mukulu mu maiso ga Mukama, so talinywa mwenge waire ekitamiilya; era alijjuzulibwa Omwoyo Omutukuvu, okuva mu kida kya maye.16Era bangi mu baana ba Isiraeri alibairya eri Mukama Katonda waabwe. 17Alibatangira mu maiso ge: mu mwoyo n'amaani ge Eriya aliryawo emyoyo gya bazeiza eri abaana, n'abatawulira okutambuliranga mu magezi g'abatuukirivu; okutegekera Mukama abantu abateekeibweteekeibwe.18Awo Zaakaliya n'akoba malayika nti Nakimanyire ntya ekyo? kubanga nze ndi mukaire, no mukali wange akairikire mu myaka gye. 19Awo malayika n'airamu n'amukoba nti Ninze Gabulyeri, ayemerera mu maiso ga Katonda; era natumiibwe okutumula naiwe n'okukukobera ebigambo ebyo ebisa. 20Kale, bona, olisirika era nga tosobola kutumula, okutuusia ku lunaku lwe biribbaawo ebyo, kubanga toikirirye bigambo byange, ebirituukirizibwa mu kutuuka kwabyo.21Awo abantu babbaire balindirira Zaakaliya, ne beewuunya bw'alwire mu yeekaalu. 22Awo bwe yafulumire n'atasobola kutumula nabo: ne bategeera nti aboine okwolesebwa mu yeekaalu: n'alwawo ng'abawenya n'omukono ng'akaali asiriwaire. 23Awo olwatuukire, enaku egy'okuweereza kwe bwe gyaweireyo, n'airayo eika ewuwe.24Awo enaku egyo bwe gyabitirewo omukali we Erisabesi n'abba ekida: ni yegisirara emyezi itaanu, ng'akoba nti 25Atyo Mukama bw'ankolere mu naku gye yaningiririremu okuntoolaku ensoni mu bantu.26Awo mu mwezi ogw'omukaaga malayika Gabulyeri n'atumibwa Katonda mu kibuga eky'e Galiraaya eriina lyakyo Nazaaleesi, 27eri omuwala atamaite musaiza eyabbaire ayogerezeibwe omusaiza eriina lye Yusufu ow'omu nyumba ya Dawudi; n'eriina ly'omuwala Malyamu. 28Awo n'ayingira omumwe, n'akoba nti Mirembe iwe aweweibwe einu ekisa, Mukama ali naiwe. 29Naye iye ne yeeraliikirira ekigambo ekyo, n'alowooza okulamusa okwo bwe kuli.30Awo malayika n'amukoba nti Totya, Malyamu; kubanga oboine ekisa eri Katonda. 31Era, bona, olibba kida, olizaala omwana ow'obulenzi, olimutuuma eriina Yesu. 32Oyo alibba mukulu, alyetebwa Mwana w'Oyo Ali waigulu einu. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi zeizawe: 33era yafuganga enyumba ya Yakobo emirembe n'emirembe, so obwakabaka bwe tebuliwaawo.34Awo Malyamu n'akoba malayika nti Kiribba kitya ekyo, kubanga timaite musaiza? 35Ne malayika n'airamu n'amukoba nti Omwoyo Omutukuvu alikwizira, n'amaanyi g'Oyo Ali waigulu einu galikusiikirizia: era ekyo ekirizaalibwa kyekiriva kyetebwa ekitukuvu, omwana wa Katonda.36Bona, Erisabesi mugande wo, era iye ali kida kyo mwana wo bulenzi mu bukaire bwe; guno niigwo mwezi gwe ogw'omukaaga eyayetebwanga omugumba. 37Kubanga wabula kigambo ekiva eri Katonda kiribulwa maani. 38Malyamu n'akoba nti Bona, nze ndi muzaana wa Mukama; kibbe ku nze nga bw'okobere. Awo malayika n'ava gy'ali.39Awo mu naku egyo Malyamu n'ayimuka n'ayaba mangu mu nsi ey'ensozi, mu kibuga kya Yuda; 40n'ayingira mu nyumba ya Zaakaliya n'alamusa Erisabesi. 41Awo olwatuukire Erisabesi bwe yawuliire okulamusa kwa Malyamu, omwana n'abuukabuuka mu kida kye; Erisabesi n'aizulibwa Omwoyo Omutukuvu;42n'atumulira waigulu n'eidoboozi inene n'akoba nti Oweweibwe omukisa iwe mu bakali, n'ekibala eky'omu kida kyo kiweweibwe omukisa. 43Nzeena kale ekigambo kino kiviire wa, maye wa Mukama wange okwiza gye ndi? 44Kubanga bona, eidoboozi ly'okusugirya kwo bwe liyingiire mu matu gange, omwana n'abuukabuuka mu kida kyange, olw'eisanyu. 45Aweweibwe omukisa eyaikirirye; kubanga birituukirizibwa ebyo bye wakobeibwe Mukama.46Malyamu n'akoba nti Emeeme yange etendereza Mukama, 47N'omwoyo gwange gusanyukiire Katonda Omulokozi wange.48Kubanga aboine obunaku bw’omuzaana we: Kubanga, bona, okusooka atyanu ab’emirembe gyonagyona banjetanga Aweweibwe omukisa. 49Kubanga Omuyinza ankoleire ebikulu; N'eriina ly'eitukuvu.50N'ekisa kye kiri mu bamutya; Emirembe n'emirembe. 51Alagire amaani n'omukono gwe; Asaansaanyirye abalina amalala mu kuteerera kw'omu mwoyo gyabwe.52Abbingire abafuzi abeekudumbalya ku ntebe gyabwe, Agulumizirye abeetoowazia. 53Abalina enjala abaikutirye ebisa; N'abagaiga ababbingire nga babula kintu.54Abbereire Isiraeri omwidu we Aijukire ekisa kye. 55(Nga bwe yakobere bazeiza baisu) Eri Ibulayimu n'eizaire lye, emirembe gyonagyona.56Awo Malyamu n'amalayo emyezi ng'aisatu, n'aira ewuwe. 57Awo ebiseera bya Erisabesi ne bituuka okuzaala: n'azaala omwana wo bulenzi. 58Abaliraanwa be n'ab'ekika kye ne bawulira nga Mukama amugulumiririzirye ekisa kye, ne basanyukira wamu naye.59Awo olwatuukire ku lunaku olw'omunaana, ne baiza okukomola omwana; babbaire bataka okumutuuma eriina lya Itaaye Zaakaliya. 60Maye n'airamu nakoba nti Bbe, yeena anaatuumibwa Yokaana. 61Ne bamukoba nti Wabula wo mu kika kyo ayetebwa eliina eryo.62Ne bawenya Itaaye, bw'ataka okumutuuma. 63N'ataka ekipande eky'okuwandiikaku, n'awandiika, n'akoba nti Eriina lye Yokaana. Ne beewuunya bonnabona.64Amangu ago omunwa gwe ne kazibuka, n'olulimi lwe ne lusumulukuka, n'atumula nga yeebalya Katonda. 65Bonnabona ababbaire balirainewo ne batya. N'ebigambo ebyo byonabyona ne bibuna mu nsi yonayona ey'ensozi ey'e Buyudaaya. 66Ne bonnabona abaabuwuliire ne babiteeka mu myoyo gyabwe, ne bakoba nti Kale omwana oyo alibba ki? kubanga omukono gwa Mukama gwabbaire wamu naye.67Itaaye Zaakaliya n'aizulibwa Omwoyo Omutukuvu, n'alagula, ng'akoba nti 68Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri; Kubanga akyaliire abantu be, era abanunwire,69Era atuyimusirye eiziga ery'obulokozi Mu nyumba y'omwidu we Dawudi. 70(Nga bwe yatumuliire mu munwa gwa banabbi be abatukuvu, ababbairewo kasookedde ensi ebbaawo), 71Okulokolebwa mu balabe baisu; no mu mikono gy'abo bonnabona abatukyawa;72Okutuukirirya ekisa kye yasuubizirye bazeiza baisu, N'okwijukira endagaanu ye entukuvu. 73Okutuukirirya ekirayiro kye yalayiriire Zeiza waisu Ibulayimu, 74Okukituwa ife; ife bwe tulokolebwa mu mikono gy'abalabe baisu, Kaisi tumuweereze nga tubulaku kye tutya, 75Mu butukuvu no mu butuukirivu mu maiso ge enaku gyaisu gyonagyona.76Weena, omwana, okyetebwa naabbi w'Oyo Ali waigulu einu: Kubanga olitangira Mukama okulongoosia amangira ge; 77Okumyansia abantu be obulokozi, Ebibbiibi byabwe bibatoolebweku78Olw'ekisa kya Katonda waisu ekisa eŋamba kyeviire etusalira eva mu igulu, 79Okwakira abatyama mu ndikirirya, no mu kiwolyo ky'olumbe, Okuluŋamya ebigere byaisu mu ngira ey'emirembe.80Omwana n'akula, n'ayongerwaku amaani mu mwoyo; n'abba mu malungu okutuusia ku lunaku lwe yayoleseibwe eri Isiraeri.
1Awo olwatuukire mu naku egyo eiteeka ne liva eri Kayisaali Augusito ab'ensi gyonagyona okuwandiikibwa. 2Okwo niikwo kuwandiikibwa okwasookere okubbaawo Kuleniyo bwe yabbaire nga niiye afuga Obusuuli. 3Bonnabona ne baaba okwewandiika, buli muntu mu kibuga kyabwe.4No Yusufu n'ava e Nazaaleesi mu kibuga eky'e Galiraaya, n'aniina e Buyudaaya, okwaba mu kibuga kya Dawudi, ekyetebwa Besirekemu, kubanga yabbaire wo mu nyumba era wo mu kika kya Dawudi, 5yeewandiike no Malyamu, gwe yabbaire ayogereza, ng'ali kida.6Awo olwatuukire baabbaire bali eyo, enaku gye egy'okuzaala ne gituuka. 7N'azaala omwana we omuberyeberye; n'amubiika mu ngoye egy'obwana obuwere n'amuzazika mu kisibo, kubanga tebaboine ibbanga mu kisulo ky'abageni.8Wabbairewo abasumba mu nsi eyo abaatyamanga ku itale, nga bakuuma ekisibo kyabwe obwire mu mpalo. 9Awo malayika wa Mukama n'ayemerera we babbaire, n'ekitiibwa kya Mukama ne kibeetooloola nga kimasiamasia, ne batya inu.10Malayika n'abakoba nti Temutya; kubanga, bona, mbaleetera ebigambo ebisa eby'eisanyu eringi eririba eri abantu bonnabona: 11kubaaga atyanu azaliibwe gye muli Omulokozi mu kibuga kya Dawudi, niiye Kristo Mukama waisu. 12Kano niiko kabonero gye muli; mwabona omwana omuwere ng'abiikibwe mu ngoye ez'obwana obuwere ng'azazikiibwe mu kisibo.13Awo amangu ago wabbairewo na ba malayika obo bangi ab'omu igye ery'omu igulu nga batendereza Katonda, nga bakoba nti 14Ekitiibwa kibbe eri Katonda waigulu einu; No mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa.15Awo olwatuukire, bamalayika bwe baaviire gye babbaire okwaba mu igulu, abasumba ne bakobagana nti Kale twabe e Besirekemu tubone ekigambo kino ekibbaireyo, Mukama ky'atutegeezerye. 16Ne baiza mangu, ne babona Malyamu no Yusufu n'omwana omuwere ng'azazikiibwe mu kisibo.17Awo bwe bababoine, ne bategeeza ekigambo kye baabuuliirwe ku mwana oyo. 18bonnabona abaawuliire ne beewuunya ebyo abasumba bye baababuuliire. 19Naye Malyamu ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonabyona, ng'abirowooza mu mwoyo gwe. 20Awo abasumba ne bairayo, nga bagulumiza nga batendereza Katonda olw'ebigambo byonabyona bye baawuliire, bye baboine, nga bwe baabuuliirwe.21Awo enaku Omunaana bwe gyatuukire ez'okumukomoleramu, n'atuumibwa eriina lye Yesu, lidi eryatumwirwe malayika nga akaali kubba mu kida.22Awo enaku bwe zaatuukire ez'okulongooka kwabwe ng'amateeka ga Musa bwe gali, ne bamutwala ne bamwambukya e Yerusaalemi: okumwanjulira Mukama 23(nga bwe kyawandiikiibwe mu mateeka ga Mukama nti Buli kisaiza ekigula kida kyayetebwanga kitukuvu eri Mukama), 24n'okuwaayo sadaaka nga bwe kyatumwirwe mu mateeka ga Mukama, bukaamukuukulu bubiri, oba obuyemba obutobuto bubiri.25Era, bona, waaliwo omuntu mu Yerusaalemi eriina lye Simyoni, omuntu oyo yabbire mutuukirivu, era atya Katonda, ng'alindirira okusanyusibwa kwa Isiraeri: era Omwoyo Omutukuvu yabbaire ku iye. 26Oyo yabikuliirwe Omwoyo Omutukuvu nti talibona kufa nga akaali kubona ku Kristo wa Mukama.27N'aizira mu Mwoyo mu yeekaalu: abakaire be bwe bayingiirye omwana Yesu okumukola nga bw'eri empisa y'amateeka, 28awo iye n'amukwata mu mikono gye, ne yeebalya Katonda n'akoba nti 29Mukama wange, atyanu osebule omwidu wo Emirembe, ng'ekigambo kyo bwe kyali.30Kubanga amaiso gange gaboine obulokozi bwo, 31Bwe wateekereteekere mu maiso g'abantu bonnabona: 32Okubba omusana ogw'okumulisia amawanga, N'okubba ekitiibwa ky'abantu bo Isiraeri.33Kitaaye no maye ne beewuunyanga ebigambo ebyo ebyamutumwirweku; 34awo Simyoni n'abasabira omukisa, n'akoba Malyamu maye nti bona, ono ateekeibwewo bangi mu Isiraeri bagwenga bayemererenga, n'okubba akabonero akavumibwa; 35era iwe ekitala kirikusumita mu meeme; ebirowoozo eby'emyoyo emingi kaisi bibikulwe.36Awo wabbairewo Ana, nabbi omukali, omuwala wa Fanweri, ow'omu kika kya Aseri (yabbaire Yaakamala emyaka mingi, yabbaire n'oibaye emyaka musanvu okuva mu butobuto bwe, 37naye yabbaire namwandu nga yaakamala emyaka kinaana n'eina), ataavanga mu Yeekaalu, ng'asinza n'okusiibanga n'okwegayiriranga ebwire n'emisana. 38Oyo bwe yazire mu kiseera ekyo ne yeebalya Katonda, n'abuulira ebigambo bye eri bonnabona ababbaire balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.39Awo bwe baamalire okutuukirirya byonabyona ebiri mu mateeka ga Mukama, ne bairayo e Galiraaya mu kibuga ky'ewaabwe Nazaaleesi. 40Awo omwana n'akula, n'ayongerwaku amaani, n'aizulibwa amagezi: ekisa kya Katonda ne kibbanga ku iye.41Awo bakaire be bayabanga e Yerusaalemi buli mwaka ku mbaga ey'Okubitako. 42Awo bwe yabbaire Yaakamala emyaka ikumi n'ebiri, ne bayambuka nga bw'eri empisa y'embaga: 43awo bwe baatuukirye enaku gyabwe, babbaire nga bairayo, omwana oyo yesu n'asigala mu Yerusaalemi, na bakaire be ne batamanya; 44naye bwe baalowoozere ng'ali mu kisinde kyabwe, ne batambula olugendo lwa lunaku lumu, ne bamusagira mu bagande baabwe no mu mikwanu gyabwe:45bwe bataamuboine ne bairayo e Yerusaalemi, nga bamusagira. 46Awo olwatuukire bwe waabitirewo enaku isatu ne bamusanga mu yeekaalu, ng'atyaime wakati mu begeresya, ng'abawulisisya, ng'ababuulya 47bonnabona abaamuwuliire ne bawunikirira olw'amagezi ge n'okwiramu kwe.48Awo bwe baamuboine ne basamaalirira: maye n'amukoba nti Mwana wange, kiki ekikukoleserye iwe otyo? bona, kitaawo nanze twakusagiire nga tunakuwaire. 49N'abakoba nti Mwansagiriire ki? Temwamanyire nga kiŋwaniire okubba mu bigambo bya Itawange? 50Ne batategeera kigambo ekyo kye yabakobere.51N'aserengeta nabo n'aiza e Nazaaleesi, n'abagonderanga: maye ne yeekuumanga ebigambo ebyo byonabyona mu mwoyo gwe. 52Awo Yesu ne yeeyongerangaku amagezi n'okukula, ne mu kisa eri Katonda n'eri abantu.
1Awo mu mwaka ogw'eikumi n'eitaanu ku mirembe gya Tiberiyo Kayisaali, Pontiyo Piraato bwe yabbaire nga niiye weisaza ly'e Buyudaaya, no Kerode bwe yabbaire nga niiye afuga e Galiraaya, no Firipo mugande bwe yabbaire nga niiye afuga Ituliya n'ensi ey'e Tirakoniti, ne Lusaniya bwe yabbaire nga niiye afuga Abireene; 2no Ana no Kayaafa bwe babbaire nga niibo bakabona abasinga obukulu, ekigambo kya Katonda ne kizira Yokaana omwana wa Zaakaliya, mu idungu.3N'aiza mu nsi yonayona eriraine Yoludaani, ng'abuulira okubatizibwa okw'okwenenya olw'okutoolebwaku ebibbiibi;4nga bwe kyawandiikiibwe mu kitabo eky'ebigambo bya nabbi Isaaya nti Eidoboozi ly'oyo atumulira waigulu mu idungu nti mulongoosie oluguudo lwa Mukama, Muluŋamye amangira ge.5Na buli lusozi n'akasozi biritereezebwa: N'ekikyamire kirigololwa, N'amangira agatali masende galitereezebwa; 6N'abalina omubiri bonabona balibona obulokozi bwa Katonda.7Awo n'akoba ebibiina ebyafulumanga okubatizibwa iye nti Imwe abaana b'emisota, yani eyabalabwire okwiruka obusungu obwaba okwiza?8Kale mubale ebibala ebisaanira okwenenya, so temusooka kutumula mukati mwanyu nti Tulina zeiza niiye Ibulayimu: kubanga mbakoba nti Katonda asobola amabbaale gano okugafuuliranga Ibulayimu abaana.9Ne Atyanu empasa eteekeibwe ku kikolo ky'emisaale kale buli musaale ogutabala bibala bisa gutemebwa, gusuulibwa mu musyo.10Ebibiina ne bamubuulya nga bakoba nti Kale tukole ki? 11N'airamu n'abakoba nti Alina ekanzo eibiri, amuweeku eimu abula, n'alina emere akole atyo.12N'abawooza ne baiza okubatizibwa, ne bamukoba nti Omuyigiriza tukole ki? 13N'abakoba nti Temusoloozianga kusukirirya okusinga bwe mwalagiirwe.14Era basirikale ne bamubuulya, nga bakoba nti Feena tukole ki? n'abakoba nti Temujooganga muntu so temukakanga; era empeera yanyu ebamalenga.15Awo abantu bwe babbaire nga basuubira, era bonabona nga balowooza ebigambo bya Yokaana mu myoyo gyabwe oba nga koizi niiye Kristo; 16Yokaana n'airamu n'akoba bonabona nti Mazima nze mbabatiza n'amaizi; naye aiza y'ansinga amaani, so nzeena timsaanira kusumulula lukoba lwe ngaito gye: niiye alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omusyo:17olugali niirwo luli mu mukono gwe, okulongoosia einu eiguuliro lye, n'okukuŋaanyirya eŋaanu mu kideero kye; naye ebisusunku alibyokya n'omusyo ogutazikira.18Era n'ababuulirira ebindi bingi ng'abuulira abantu ebigambo ebisa; 19naye Kerode owiesaza, bwe yamunenyere olwa Kerodiya muka mugande, n'olw'ebigambo ebibbiibi byonabyona Kerode bye yakolere, 20ate ku ebyo byonabyona n'ayongeraku kino, n'akwata Yokaana n'amuteeka mu ikomera.21Awo olwatuukire, abantu bonabona bwe babbaire nga babatizibwa, no Yesu bwe yamalire okubatizibwa, bwe yasabire, eigulu ne libikkuka. 22Omwoyo Omutukuvu n'aika ku iye mu kifaananyi eky'omubiri ng'eiyeba, n'eidoboozi ne lifuluma mu igulu nti Niiwe mwana wange omutakibwa; nkusanyukira inu.23Era Yesu mwene, bwe yasookere okwegeresya, yabbaire yaakamala emyaka nga asatu nga niiye mwana (nga bwe yalowoozeibwe) owa Yusufu, mwana wa Eri, 24mwana wa Matati, mwana wa Leevi, mwana wa Mereki, mwana wa Yanayi, mwana wa Yusufu,25mwana wa Mattasiya, mwana wa Amosi, mwana wa Nakumu, mwana wa Esuli, mwana wa Nagayi, 26mwana wa Maasi, mwana wa Matasiya mwana wa Semeyini, mwana wa Yoseki, mwana wa Yoda,27mwana wa Yokanaani, mwana wa Lesa, mwana wa Zerubaberi, mwana wa Seyalutiyeeri, mwana wa Neeri, 28mwana wa Mereki, mwana wa Addi, mwana wa Kosamu, mwana wa Erumadamu, mwana wa Eri, 29mwana wa Yesu, mwana wa Eryeza, mwana wa Yolimu, mwana wa Matati, mwana wa Leevi,30mwana wa Simyoni, mwana wa Yuda, mwana wa Yusufu, mwana wa Yoaamu, mwana wa Eriyakimu, 31mwana wa Mereya, mwana wa Mena, mwana wa Matasa, mwana wa Nasani, mwana wa Dawudi, 32mwana wa Yese, mwana wa Obedi, mwana wa Bowaazi, mwana wa Salumooni,mwana wa Nakusoni,33mwana wa Aminadaabu, mwana wa Aluni, mwama wa Kezulooni, mwana wa Pereezi, mwana wa Yuda, 34mwana wa Yakobo, mwana wa Isaaka, mwana wa Ibulayimu, mwana wa Teera, mwana wa Nakoli, 35mwana wa Serugi, mwana wa Lewu, mwana wa Peregi, mwana wa Eberi, mwana wa Sera,36mwana wa Kayinaani, mwana wa Alupakusaadi, mwana wa Seemu, mwana wa Nuuwa, mwana wa Lameki; 37mwana wa Mesuseera, mwana wa Enoki, mwana wa Yaledi, mwana wa Makalaleeri, mwana wa Kayinaani, 38mwana wa Enosi, mwana wa Seezi, mwana wa Adamu, mwana wa Katonda.
1Awo Yesu bwe yazwire Omwoyo Omutukuvu n'aira ng'ava ku Yoludaani, Omwoyo n'amutwala mu idungu, 2n'amalayo enaku ana, ng'akemebwa Setaani. So tiyalyanga kintu mu naku egyo; awo bwe gyaweire, enjala n'emuluma.3Setaani n'amukoba nti Oba oli Mwana wa Katonda, koba eibbaale lino lifuuke emmere. 4Yesu n'amwiramu nti Kyawandiikiibwe nti Omuntu tabbenga mulamu na mere yonka.5N'amuniinisia; n'amulaga obwakabaka bwonabwona obw'omu nsi mu kaseera katono. 6Setaani n'amukoba nti Naakuwa iwe obuyinza buno bwonabwona, n'ekitiibwa kyamu; kubanga naweweibwe nze: era ngabira buli gwe ntaka. 7Kale bw'ewansinza mu maaio gange, buno bwonabwona bwabba bubwo.8Yesu n'airamu n'amukoba nti Kyawandiikiibwe nti Osinzanga Mukama Katonda wo, gw'ewaweerezanga yenka.9N'amutwala e Yerusaalemi, n'amuteeka ku kitikkiro kya yeekaalu, n'amukoba nti Oba oli Mwana wa Katonda, yemerera wano, weesuule wansi; 10kubanga Kyawandiikiibwe nti Alikulagiririrya bamalayika be bakukuumire dala; 11Era nti Balikuwanirira mu mikono gyabwe, Oleke okwesitala ekigere kyo ku ibbaale.12Yesu n'airamu n'amugamba nti Kyatumwirwe nti Tokemanga Mukama Katonda wo. 13Setaani bwe yamalire buli kikemo n'amulekaku ekiseera.14Awo Yesu n'aira e Galiraaya mu maani ag'Omwoyo: eitutumu lye ne lyaba nga libuna mu nsi gyonagyona egirirainewo. 15N'ayegeresyanga mu makuŋaaniro gaabwe bonabona nga bamutendereza.16N'aiza e Nazaaleesi gye yajuliire; ku lunaku olwa sabbiiti n'ayingira mu ikuŋaaniro nga bwe yabbaire empisa ye, n'ayemerera okusoma. 17Ne bamuwa ekitabo kya nabbi Isaaya, n'abikkula ekitabo, n'abona ekitundu awawandiikiibwe nti18Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, Kubanga yanfukireku amafuta okubuulira abaavu ebigambo ebisa: Antumire okutendera abanyage okulekulibwa, N'okuzibula abazibe b'amaiso, Okubalekula ababetenteibwe, 19Okutendera omwaka gwa Mukama ogwaikiriziibwe.20N'abikaku ekitabo, n'akirirya omuweereza n'atyama; abantu bonabona ababbaire mu ikuŋaaniro ne bamusimbaku amaiso. 21N'atandiika okubakoba nti Atyanu ebyawandiikibwa bino bituukiriire mu matu ganyu: 22Bonabona ne bamwetegerezia, ne beewuunya olw'ebigambo eby'ekisa ebiviire mu munwa gwe: ne bakoba nti Ono ti niiye Omwana wa Yusufu?23N'abakoba nti Temulireka kunkoba lugero luno nti Omusawo, weewonye wenka: byonabyona bye twawuliire nga bikolerwa e Kaperunawumu, bikolere na wano mu kyalo kyanyu. 24N'akoba nti Mazima mbagamba nti wabula nabbi aikirizibwa mu kyalo kyabwe.25Naye mazima mbakoba nti Wabbairewo banamwandu bangi mu Isiraeri mu biseera bya Eriya, eigulu lwe lyaigaliirwe emyaka isatu ne emyezi mukaaga, enjala nyingi bwe yagwire ku nsi yonayona; 26Eriya teyatumiibwe eri omumu ku ibo wabula e Zalefasi, mu nsi ya Sidoni, eri omukali namwandu. 27Era waaliwo abantu bangi abagenge mu Isiraeri mu biseera bya Erisa nabbi; wabula n'omumu ku ibo eyalongooseibwe, wabula Naamani yenka Omusuuli.28Ne baizula obusungu bonabona ababbaire mu ikuŋaaniro bwe baawuliire ebigambo ebyo; 29ne bayimuka, ne bamusindikira ewanza w'ekibuga ne bamutwala ku ibbanga ly'olusozi lwe baakubbireku ekibuga kyabwe, bamusuule wansi. 30Naye n'ababitamu wakati n'ayaba.31N'aserengeta e Kaperunawumu, ekibuga eky'e Galiraaya: n'abegeresianga ku lunaku olwa sabbiiti: 32ne bawuniikirira olw'okwegeresya kwe, kubanga ekigambo kye ky'abbaire n'obuyinza.33Awo mu ikuŋaaniro mwabbairemu omuntu eyabbaire ku dayimooni; n'akunga n'edoboozi inene 34nti Woowe, Otuvunaana ki iwe, Yesu Omunazaaleesi? Oizire kutuzikirirya? Nkumaite iwe bw'oli, Omutukuvu wa Katonda.35Yesu n'amubbinga ng'akoba nti Sirika, muveeku. Dayimooni bwe yamuswire wakati n'amuvaaku nga tamukolere kabbiibi. 36Okuwuniikirira ne kubakwata bonnabona ne beebuukyagana bonka na bonka nga bakoba nti Kigambo ki kino? kubanga alagira n'obuyinza n'amaani badayimooni ne bavaaku. 37Etutumu lye ne lyatiikirira mu buli kifo eky'ensi erirainewo.38N'ayimuka n'ava mu ikuŋaaniro n'ayingira mu nyumba ya Simooni. Awo maye wa muka Simooni yabbaire ng'akwatiibwe omusuja mungi, ne bamwegayirira ku lulwe. 39N'ayimirira w'ali, n'aboggolera omusuja; ne gumuwonaku amangu ago n'agolokoka n'abaweereza.40Awo eisana bwe lyabbaire ligwa, bonabona ababbaire abalwaire ab'endwaire ezitali gimu ne babamuleetera, buli mumu ku abo n'amuteekaku emikono gye, n'abawonya. 41Na badayimooni ne babavaaku bangi, ne bakunga nga bakoba nti Iwe oli Mwana wa Katonda: N'ababoggolera, n'atabaganya kutumula, kubanga baamanyire nga Niiye Kristo:42Awo obwire bwe bwakyeire, n'avaayo n'ayaba mu kifo ebula bantu: ebibiina ne bimusaagira ne baiza w'ali, ne bataka okumugaana aleke okubavaaku. 43Naye n'abakoba nti Kiŋwaniire okubuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda no mu bibuga ebindi; kubanga kye kyantumirye. 44Awo nabuuliranga mu makuŋaaniro g'e Galiraaya.
1Awo olwatuukire ebibiina bwe byamunyigirirye ne bawulira ekigambo kya Katonda, iye yabbaire ng'ayemereire ku nyanza y'e Genesaleeti; 2n'abona amaato mabiri nga gali ku nyanza: naye abavubi baabbaire bagaviiremu nga bayozia ebutiimba bwabwe. 3N'asaabalaku eryato erimu, eryabbaire erya Simooni; n'amukoba okulisemberyayo katono okuva ku itale. N'atya n'ayegeresya ebibiina mu lyato.4Bwe yabbaire ng'amalire okutumula, n'akoba Simooni nti Sembera ebuliba, musuule obutiimba bwanyu, muvube. 5Simooni n'airamu n'akoba nti Omwami, twateganire okukyesia obwire ne tutakwatisia kintu: naye olw'ekigambo kyo naasuula obutiimba. 6Awo bwe baakolere batyo, ne bakwatisia ebyenyanza bingi inu kimu; obutiimba bwabwe ne butaka okukutuka; 7ne bawenya bainaabwe mu lyato erindi, baize babayambe. Ne baiza ne baizulya amaato gombiri, n'okwika ne gataka okwika.8Naye Simooni Peetero, bwe yaboine, n'avuunama ku bigere bya Yesu, n'akoba nti Ndeka; kubanga ndi muntu alina ebibbiibi, Mukama wange. 9Kubanga yawuniikiriire ne bonabona ababbaire naye olw'ebyenyanza ebingi bye baakwatisirye; 10no Yakobo no Yokaana boona batyo, abaana ba Zebbedaayo, ababbaire baikirirya ekimu no Simooni. Yesu n'akoba Simooni nti Totya: okusooka atyanu wavubanga abantu. 11Awo bwe baagoberye amaato gaabwe eitale, ne baleka byonabyona, ne baaba naye.12Awo olwatuukire bwe yabbaire mu kibuga kimu mu ebyo, bona, wabbairewo omuntu eyabbaire aizwire ebigenge; oyo bwe yaboine Yesu, n'avuunama amaiso ge n'amwegayirira, ng'akoba nti Mukama wange, bw'otaka, osobola okunnongoosia. 13N'agolola omukono gwe n'amukwataku ng'akoba nti Ntaka, longooka. Amangu ago ebigenge bye ne bimuwonaku.14Iye n'amukuutira obutakoberaku muntu; naye yaba, weerage eri kabona, oweeyo eby'okulongooka kwo, nga Musa bwe yalagiire, okubba omujulizi gye bali.15Naye ebigambo bye ne byeyongera bweyongeri okubuna, ebibiina bingi ne bikuŋaana okuwulira n'okuwonyezebwa endwaire gyabwe. 16Naye iye ne yeeyawula n'ayaba mu malungu n'asaba.17Awo olwatuukire ku lunaku lumu mu egyo, yabbaire ng'ayegeresya; n'Abafalisaayo n'abegeresya b'amateeka baabbaire batyaime awo, ababbaire baviire mu buli kibuga eky'e Galiraaya, n'e Buyudaaya n'e Yerusaalemi: n'amaani ga Mukama gabbaire naye okuwonya.18Bona, abantu ne baleetera omuntu ku kitanda eyabbaire akoozimbire: ne basala amagezi okumwegeresya, n'okumuteeka mu maiso ge. 19Bwe bataboine wo kumuyingirirya olw'ekibiina, ne baniina waigulu ku nyumba, ne bamuyisia mu matafaali ne bamwikirya ku kitanda kye wakati mu maiso ga Yesu.20Awo bwe yaboine okwikirirya kwabwe, n'akiba nti Omuntu, ebibbiibi byo bikutooleibweku. 21Abawandiiki n'Abafalisaayo ne batandikiika okuwakana, nga bakoba nti Yani ono aytumula eby'okuvoola? Yani asobola okutoolaku ebibbiibi, wabula Katonda yenka?22Naye Yesu bwe yategeire okuwakana kwabwe n'airamu n'abakoba nti Muwakana ki mu myoyo gyanyu? 23Ekyangu kiriwaina, okukoba nti Ebibbiibi byo bikuooleibweku; oba okukoba nti Golokoka otambule? 24Naye mutegeere nga Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okutoolaku ebibbiibi (n'akoba oyo eyabbaire akoozimbire), Nkukoba nti Yimuka, ositule ekitanda kyo, oireyo mu nyumba yo.25Amangu ago n'ayimuka mu maiso gaabwe, n'asitula ekyo kye yabbaire agalamiireeku, n'ayaba ewuwe, ng'agulumiza Katonda. 26Okuwuniikirira ne kubakwata bonabona, ne bagulumiza Katonda; ne batya inu, nga bakoba nti Tuboine eby'ekitalo atyanu.27Awo oluvanyuma lw'ebyo n'avaayo n'abona omuwooza eriina lye Leevi, ng'atyaime mu iwoolezio, n'amukoba nti Bita nanze. 28N'aleka byonabyona, n'agolokoka, n'abita naye.29Leevi n'amufumbira embaga nene mu nyumba ye: era wabbairewo ekibiina kinene eky'abawooza n'eky'abandi ababbaire batyaime nabo ku mere. 30Abafalisaayo n'abawandiiki baabwe ne beemulugunyizia abayigirizwa be, nga bakoba nti Kiki ekibaliisia n'okunywera awamu n'abawooza n'abantu abalina ebibbiibi? 31Yesu n'airamu n'abakoba nti Abalamu tebeetaaga musawo; wabula abalwaire. 32Nze tinaizire kweta batuukirivu wabula abantu abalina ebibbiibi okwenenya.33Boona ne bamukoba nti Abayigirizwa ba Yokaana basiiba emirundi mingi, era basaba; era n'ab'Abafalisaayo batyo; naye ababo balya, banywa. 34Yesu n'abakoba nti Kale musobola okusiibya abaana b'obugole, akweire omugole bw'abba ng'ali nabo? 35Naye enaku giriiza; awo akweire omugole lw'alibatoolebwaku, ne kaisi ne basiiba mu naku egyo.36Era n'abagerera olugero nti wabula muntu akanula ku lugoye oluyaka ekiwero n'akitunga mu lugoye olukaire; kuba bw'akola atyo, oluyaaka lukanula olukaire era n'ekiwero kikanula ku luyaka tekifaanana na lukaire.37So wabula muntu afuka omwenge omusu mu nsawo egy'amawu enkaire; kubanga omwenge omusu gwabya ensawo egy'amawu, ne guyiika, n'ensawo egy'amawu gifaafaagana. 38Naye kigwana omwenge omusu okugufuka mu nsawo egy'amawu enjaka. 39So wabula muntu anyire ku mwenge omukulu ataka omutomuto; kubanga akiba nti Omukulu niigwo musa.
1Awo olwatuukire ku sabbiiti bwe yabbaire abita mu nimiro gy'eŋaanu; abayigirizwa be ne banoga ebirimba by'eŋaanu, ne balya, nga bakunya mu ngalo gyaabwe. 2Naye Abafalisaayo abamu ne bakoba nti Kiki ekibakozesya eky'omuzizio okukolera ku sabbiiti?3Yesu n'abairamu n'akoba nti Era kino temukisomangaku, Dawudi kye yakolere, bwe yalumirwe enjala iye ne be yabbaire nabo; 4bwe yayingiire mu nyumba ya Katonda, natoola emigaati egy'okulaga n'alya, era n'agiwa be yali nabo; egy'omuzizo okulya wabula bakabona bonka? 5N'abakoba nti Omwana w'omuntu niiye mukama wa sabbiiti.6Awo olwatuukire ku sabbiiti egendi, n'ayingira mu ikuŋaaniro n'ayegeresya; mwabbaire mu omuntu omukono gwe omuliiro gwabbaire gukalire. 7Awo abawandiiki n'Abafalisaayo ne bamulingilira, oba ng'ayawonyerya ku sabbiiti, kaisi babone bwe bamuloopa. 8Naye n'amanya ebirowoozo byabwe, n'akoba omuntu eyabbaire n'omukono ogukalire nti Golokoka, oyemerere wakati. N'agolokoka n'ayemerera.9Awo Yesu n'abakoba nti Mbabuulya imwe, Kisa ku sabbiiti okukola okusa, oba kukola kubbiibi, okuwonya obulamu oba kubuzikirizia? 10N'abeetooloolya amaiso bonabona, n'amugamba nti Golola omukono gwo. N'akola atyo; omukono gwe ne guwona. 11Naye ne balaluka, ne batumula bonka na bonka bwe bakola Yesu.12Awo olwatuukire mu naku egyo, n'avaayo n'ayaba ku lusozi okusaba; n'akyeesia obwire ng'asaba Katonda. 13Awo obwire bwe bwakyeire, n'ayeta abayigirizwa be; mu ibo n'alondamu ikumi na babiri, n'okweta n'abeeta abatume;14Simooni era gwe yatuumire Peetero, no Andereya mugande, no Yakobo no Yokaana, no Firipo no Batolomaayo, 15ne Matayo no Tomasi, no Yakobo, omwana wa Alufaayo, no Simooni eyayeteibwe Zerote, 16no Yuda mugande wa Yakobo, no Yuda Isukalyoti eyamuliiremu olukwe;17n'aika nabo, n'ayemerera awatereevu, n'ekibiina kinene eky'abayigirizwa be n'abantu bangi abaaviire e Buyudaaya yonayona n'e Yerusaalemi, n'abaaviire ku itale ly'enyanza ey'e Tuulo n'e Sidoni, abaizire okumuwulira n'okuwonyezebwa endwaire gyabwe; 18n'ababbaire babonyaabonyezebwa dayimooni ne bawonyezebwa. 19N'ekibiina kyonakyona ne kisala amagezi okumukwataku bukwati: kubanga amaani gaavanga mu iye ne gabawonya bonabona.20N'ayimusirya amaiso abayigirizwa be n'akoba nti Mulina omukisa abaavu; kubanga obwakabaka bwa Katonda niibwo bwanyu. 21Mulina omukisa abalumwa enjala atyanu; kubanga mulikutibwa. Mulina omukisa, abakunga atyanu; kubanga muliseka.22Mulina omukisa, abantu bwe babakyawanga, bwe babeewalanga, bwe babavumanga, bwe bagadyanga eriina lyayu nga Ibbiibi, okubavunaania Omwana w'omuntu. 23Musanyukanga ku lunaku olwo, mujuukanga olw'eisanyu: kubanga, bona, empeera yanyu nyingi mu igulu: kubanga bazeiza banyu bwe baakolanga banabbi batyo.24Naye gibasangire imwe abagaiga! kubanga mumalire okuba n'eisanyu lyanyu. 25Gibasangire imwe abaikutire atyanu! kubanga mulirumwa enjala. Gibasangire imwe abaseka atyanu! kubanga mulinakuwala, mulikunga.26Gibasangire, abantu bonabona bwe balibasiima! kubanga batyo bazeiza babwe bwe baakolanga banabbi ab'obubbeyi.27Naye mbakoba mwe abawulira nti Mutakenga abalabe banyu, mukolenga kusa ababakyawa, 28musabirenga omukisa ababakolimira, musabirenga ababakolera ekyeju.29Oyo akukubbanga olusaya mukyusiryenga n'olw'okubiri; n'akutoolangaku omunagiro gwo, n'ekanzo togimugaananga. 30Buli akusabanga omuwanga; n'oyo akutoolangaku ebintu byo tobimusabanga ate.31Era nga bwe mutakanga abantu okubakolanga, mweena mubakolenga mutyo. 32Kale bwe mutaka abo ababataka imwe, mwebalibwa ki? kubanga n'abantu abalina ebibbiibi bataka abo ababataka. 33Era bwe mukola okusa ababakola okusa imwe, mwebazibwa ki? kubanga n'abantu abalina ebibbiibi bakola batyo. 34Era bwe mubaazika abo be musuubira okubawa, mwebazibwa ki? n'abantu abalina ebibbiibi baazika abalina ebibbiibi, era baweebwe batyo.35Naye mutakaganenga abalabe banyu mubakolenga kusa, mwazikenga so temulekangayo kusuubira; n'empeera yanyu eribba nyingi, mweena mulibba baana b'Oyo Ali waigulu einu: kubanga iye musa eri abateebaza n'ababi. 36Mubbe n'ekisa, nga Itawanyu bw'alina ekisa.37Era temusalanga musango, mweena temulisalirwa: era temusingisyanga musango, mweena temulisingibwa musango: musonyiwenga, mweena mulisonyiyibwa:38mugabenga, mweena muligabirwa; ekipimo ekisa, ekikatiirwe, ekisuukundiibwe, eky'omuyiika, kye balibaweera mu kifubba. Kubanga ekipimo ekyo kye mupimira, mweena kye mulipimirwa.39Era n'abakoba n'olugero, nti Omuzibe w'amaiso ayinza okutangira omuzibe mwinaye? tebagwa bombi mu bwina? 40Omuyigirizwa tasinga amwegeresya: naye buli muntu bw'alituukirizibwa alibba ng'amwegeresya.41Kiki ekikulingirirya akantu akali ku liiso lya mugande wo, so tolowooza ekisiki ekiri ku liiso lyo iwe? 42Oba oyinza otya okukoba mugande wo nti Mugande wange, ndeka nkutooleku akantu akali ku liiso lyo, so nga tobona ekisiki eri ku liiso lyo iwe? Munanfuusi iwe, sooka otooleku ekisiki ku liiso lyo iwe; kaisi obone kusa okutoolaku akantu akali ku liiso lya mugande wo.43Kubanga wabula musaale musa ogubala ebibala ebibbiibi, waire omusaale omubbiibi ogubala ebibala ebisa. 44Kubanga buli musaale gutegeererwa ku bibala byagwo. Kubanga tebanoga itiini ku busyoono, so tebanoga izabbibu ku mwera mainu.45Omuntu omusa ekisa akitoola mu iterekero eisa ery'omwoyo gwe; n'omubbiibi ekibbiibi akitoola mu iterekero eibbiibi: kubanga ku ebyo ebizula mu mwoyo imunwa gwe bye gutumula.46Era munjetera ki Mukama wanyu, Mukama wanyu, so nga temukola bigambo bye ntumula? 47Buli muntu yenayena aiza gye ndi n'awulira ebigambo byange n'abikola, yabbanga gw'afaanana: 48afaanana ng'omusaiza azimba enyumba n'asima wansi einu, omusingi n'aguteeka mu lwazi; awo amaizi bwe gayanjaire, omwiga ne gukulukutira ku nyumba eyo olwa maani okugisuula, n'okusobola ne gutasobola na kuginyeenya: kubanga yazimbiibwe kusa.49Naye oyo awulira n'atakola afaanana ng'omuntu eyazimbire enyumba ku itakali n'atasima musingi; awo omwiga ne gugikulukutiraku olwa maani n'ewa amangu ago, n'okugwa kw'ennyumba eyo ne kubba kunene.
1Awo bwe yamalire okutumula ebigambo bye byonabyona mu bantu, n'ayingira e Kaperunawumu.2Awo wabbairewo omwami w'ekitongole omwidu we gwe yabbaire ataka inu yali ng'alwaire ng'ayaba kufa. 3N'oyo bwe yawuliirwe ebigambo bya Yesu n'atuma bakaire b'Abayudaaya gy'ali ng'amusaba okwiza okulokola omwidu we. 4Boona bwe baizire eri Yesu, ne bamwegayirira inu, ne bakoba nti Asaaniire iwe okumukolera ekyo; 5kubanga ataka eigwanga lyaisu, n'eikuŋaaniro niiye alituzimbira.6Awo Yesu n'ayaba nabo. Awo bwe yabbaire nga tali wala n'enyumba, omwami oyo n'atuma mikwanu gye gy'ali, ng'amukoba nti Sebo, teweetawanya kwiza, kubanga nze tnisaanira iwe kuyingira wansi wa kasulya kange: 7era kyenviire nema okwesaanyizia nzenka okwiza gy'oli, naye tumula kigambo bugambo, n'omwana wange yawona. 8Kubanga nzeena ndi muntu mutwalibwa, nga nina basirikale be ntwala: bwe nkoba omumu nti Yaba, ayaba, n'ogondi nti Iza, aiza, n'omwidu wange nti Kola kino, akola.9Yesu bwe yawuliire ebyo n'amwewuunya n'akyukira ebibiina ebyabbaire bimusengererya n'akoba nti Mbakoba nti Timbonanga kwikirirya kunene nga kuno waire mu Isiraeri. 10Awo abantu abaatumiibwe bwe bairire mu nyumba, ne basanga omwidu ng'awonere.11Awo olwatuukire bwe wabitirewo eibbanga itono n'ayaba mu kibuga ekyetebwa Nayini; abayigirizwa be n'ekibiina kinene ne baaba naye. 12Awo bwe yasembeire ku wankaaki w'ekibuga, bona, omulambo nga gufulumizibwa ewanza, gwo mwana maye gwe yazaire mumu, no maye oyo nga namwandu; n'abantu bangi ab'omu kibuga omwo nga bali naye. 13Awo Mukama waisu bwe yamuboine n'amusaasira, n'amukoba nti Tokunga. 14N'asembera n'akoma ku lunyu: badi ababbaire beetikire ne bemerera. N'akoba nti Omulenzi, nkukoba nti Golokoka. 15Oyo eyabbaire afiire n'agolokoka, n'atyama n'atandiika okutumula. N'amuwa maye.16Okutya ne bubakwata bonabona, ne bagulumiza Katonda; nga bakoba nti Nabbi omukulu ayimukiire mu ife: era Katonda akyaliire abantu be. 17N'ekigambo kye ekyo ne kibuna mu Buyudaaya bwonabwona no mu nsi yonayona erirainewo.18Awo abayigirizwa ba Yokaana ne bamubuulira ebigambo ebyo byonabyona. 19Yokaana n'ayeta abayigirizwa be babiri n'abatuma eri Mukama waisu; ng'akoba nti Niiwe oyo aiza, aba tulindirire ogondi? 20Awo abantu abo bwe baatuukire gy'ali, ne bamukoba nti Yokaana Omubatiza atutumire gy'oli ng'agamba nti Niiwe oyo aiza, oba tulindirire ogondi?21Awo mu kiseera ekyo n'awonya bangi endwaire n'okubonaabona no dayimooni, n'abazibe b'amaiso bangi n'abawa okuboa. 22Yesu n'airamu n'abakoba nti Mwabe, mubuulire Yokaana ebyo bye muboine, ne bye muwuliire; abazibe b'amaiso babona, abaleme batambula, abagenge balongoosebwa, abaigali b'amatu bawulira, abafu bazuukira, abaavu babuulirwa enjiri. 23Era alina omukisa oyo atalinneesitalaku.24Awo ababaka ba Yokaana bwe bamalire okwaba n'atanula okutumula n'ebibiina ebya Yokaana nti Kiki kye mwagendereire mu idungu okubona? lugada olunyeenyezebwa n'empewo? 25Naye kiki kye mwagendereire okubona? Omuntu avaire engoye eginekaaneka? Bona, abavaala engoye ez'obuyonjo, abalya emere ensa, babba mu luya lwa bakabaka. 26Naye kiki kye mwagendereire okubona? Nabbi? Niiwo awo, mbakoba, era asingira dala nabbi.27Oyo niiye yawandiikibweku nti Bona, nze ntuma omubaka wange mu maiso go, Alirongoosia oluguudo lwo gy'oyaba. 28Mbakoba nti mu abo abazaalibwa abakali, wabula asinga Yokaana obukulu: naye omutomuto mu bwakabaka bwa Katonda niiye omukulu okusinga iye.29N'abantu bonabona bwe baawuliire n'abawooza ne baikirirya Katonda okubba omutuukirivu abaabatizibwa mu kubatiza kwa Yokaana. 30Naye Abafalisaayo n'abegeresya b'amateeka ne beegaanira okuteesia kwa Katonda kubanga tebaabatizibwe iye.31Kale abantu b'emirembe gino naabafaananya ki? era balinga ki? 32Balinga abaana abatyama mu katale, nga bayetagana; abakoba nti Tubafuuwire emirere ne mutakina; tukubbire ebiwoobe, ne mutakunga maliga.33Kubanga Yokaana Omubatiza yaizire nga talya mere so nga tanywa mwenge; ne mukoba nti Aliku dayimooni. 34Omwana w'omuntu yaizire ng'alya ng'anywa, ne mukoba nti Bona, omuntu omuluvu, omutamiivu, mukwanu gw'abawooza era ogw'abalina ebibbiibi. 35Era amagezi gaweebwa obutuukirivu olw'abaana baago bonabona.36v36 Awo Omufalisaayo omumu n'amweta okulya naye. N'ayingira mu nnyumba ey'Omufalisaayo oyo n'atyama ku mere. 37Kale, bona, omukali eyabbaire mu kibuga omwo, eyabbaire n'ebibbiibi, bwe yamanyire ng'atyaime ku mere mu nyumba ey'Omufalisaayo, n'aleeta ecupa ey'amafuta ag'omusita, 38n'ayemerera emagere ku bigere bye ng'akunga, n'atanula okumutonyerya amaliga ku bigere bye n'abisangula n'enziiri egy'oku mutwe gwe, n'anywegera ebigere bye n'abisiiga amafuta ago.39Awo Omufalisaayo eyamwetere bwe yaboine, n'atumula munda mu iye nti Omuntu ono, singa abaire nabbi, yanditegeire omukali amukwataku bw'ali, era bw'afaanana, ng'alina ebibbiibi. 40Yesu n'airamu n'amukoba nti Simooni, ndiku kye ntaka okukukobera. N'akoba nti Omwegeresya, tumula.41Waliwo omuntu eyawolanga, naye yabbaire na b'abanja babiri; omumu ng'abanjibwa edinaali bitaano, n'ogondi ataanu. 42Awo bwe baabbaire nga babula kyo kumusasula n'abasonyiwa bombiri. Kale ku abo alisinga okumutaka aliwaina? 43Simooni n'airamu n'akoba nti Ndowooza oyo gwe yasingire okusonyiwa enyingi: N'amukoba nti Osalire kusa.44N'akyukira omukali oyo, n'akoba Simooni nti Obona omukali ono? Nyingiire mu nyumba yo, n'otompaire maizi ge bigere byange: naye ono atonyezerye amaliga ge ku bigere byange, n'abisiimuulya enziiri gye. 45Tonywegeire iwe: naye ono we naakayingirira akaali kulekayo kunywegera bigere byange.46Tonsiigire mafuta ku mutwe gwange: naye ono ansiigire amafuta ag'omusita ku bigere byange. 47Kyenva nkukoba nti Asonyiyibwe ebibbiibi bye ebingi kubanga okutaka kwe kungi; naye asonyiyibwa akatono, okutaka kwe kutono.48N'amukoba nti Osonyiyibwe ebibbiibi byo. 49Awo ababbaire batyaime ku mere naye ne batandika okutumula bonka na bonka nti Ono niiye ani asonyiwa n'ebibbiibi? 50N'akoba omukali nti Okwikirirya kwo kukulokoire; yaba mirembe.
1Awo olwatuukire oluvanyumakuuku katono n'atambula mu bibuga no mu mbuga ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka bwa Katonda, badi eikumi n'ababiri nga bali naye, 2n'abakali abaawonyezeibweku dayimooni n'endwaire, Malyamu eyayeteibwe Magudaleene, eyaviireku dayimooni omusanvu, 3no Yowaana, muka Kuza, omuwanika wa Kerode, ne Susaana, n'abandi bangi abaabaweerezanga n'ebintu bye baalina.4Awo ekibiina ekinene bwe kyakuŋaanire n'abaavanga mu buli kibuga bwe baizire w'ali, n'agera olugero nti 5Omusigi yafulumire okusiga ensigo gye; bwe yabbaire ng'asiga, egindi ne gigwa ku mbali kw'engira; ne giniinirirwa, enyonyi gy'o mu ibbanga ne gigirya. 6Egindi ne gigwa ku lwazi; bwe gyamalire okumera ne giwotookerera; olw'obutabba na mazi.7Engindi ne gigwa wakati mu mawa; amawa ne gamerera wamu nagyo ne gagizisya. 8Egindi ne gigwa ku itakali eisa, ne gimera, ne zibalaku emere buli mpeke kikumi. Bwe yamalire okwogera ebigambo ebyo, n'atumulira waigulu nti Alina amatu ag'okuwulira awulire.9Awo abayigirizwa be ne bamubuulya nti Olugero olwo kiki? 10N'akoba nti Imwe muweweibwe okumanya ebyama eby'obwakabaka bwa Katonda: naye abandi mu ngero; era bwe babona baleke okulaba, era bwe bawulira baleke okutegeera.11Era olugero niilw luno: Ensigo nookyo kigambo kya Katonda. 12Badi ab'oku mbali kw'engira niibo bawuliire; awo Setaani n'aiza n'akwakula ekigambo mu myoyo gyabwe baleke okwikirirya n'okulokolebwa. 13N'ab'oku lwazi noobo abawulira ekigambo ne baikirirya n'eisanyu; kyoka babula mizi, baikiriryaku akaseera, era mu biseera eby'okukemebwa baterebuka.14N'egyo egyagwire mu mawa, abo niibo abawulira, awo bwe baaba ne baziyizibwa n'okweraliikirira n'obugaiga n'eisanyu ery'omu bulamu buno ne batatuukirirya kukulya mere. 15N'egyo ez'omu itakali eisa, abo niibe bawuliire ekigambo mu myoyo omugolokofu, omusa, ne bakinywezia, ne babala emere n'okugumiinkirizia.16Era wabula akoleezia etabaaza n'agisaanikira mu kiibo, oba kugiteeka wansi w'ekiri; naye agiteeka ku kikondo abayingiramu babone bw'eyaka. 17Kubanga wabula kigambo ekyakisiibwe ekitabonesebwa; waire ekyagisiibwe ekitalimanyibwa ne kiboneka mu lwatu. 18Kale mwekuumenga bwe muwulira; kubanga buli alina, aliweebwa; era buli abula n'ekyo ky'alowooza nti ali nakyo kirimutoolebwako.19Awo maye na bagande be ne baiza gy'ali, ne batasobola kumutuukaku olw'ekibiina. 20N'abakobeirwe nti Mawo na bagande bo bayemereire ewanza bataka okukubona. 21Naye n'airamu n'abakoba nti Mawange na bagande bange niibo bano abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikola.22Awo olwatuukire ku lunaku olumu ku egyo n'asaabala mu lyato iye n'abayigirizwa be; n'abakoba nti Tuwunguke twabe emitala w'ennyanza; ne baaba. 23Awo bwe baabbaire nga baseeyeeya na gona endoolo. Omuyaga mungi ne gukunta ku nyanza; amaizi ne gabba nga gataka okwizula, ne babba mu kabbiibi.24Ne baiza w'ali ne bamuzuukya, nga bakoba nti Mukama waisu, Mukama waisu, tufa. N'azuuka, n'aboggolera omuyaga n'okwefuukuula kw'amaizi; ne biikaikana, n'ebba nteefu. 25N'abakoba nti Okwikirirya kwanyu kuli waina? Ne batya ne beewuunya, ne batumulagana bonka na bonka nti Kale yani ono, kubanga n'empewo n'amaizi abiragira ne bimuwulira?26Awo ne bagoba ku nsi y'Abagerasene eyolekeire e Galiraaya. 27Awo bwe yaviiremu n'atuuka ku itale, n'asanga omuntu ng'ava mu kibuga eyalmbbaireku dayimooni, nga yaakamala enaku nyingi nga tavaala lugoye no mu nyumba nga tatyamamu, naye ng'abba mu ntaana.28Bwe yaboine Yesu n'atumulira waigulu n'avuunama mu maiso ge, n'atumula n'eidoboozi inene nti Onvunaana ki, Yesu Omwana wa Katonda ali waigulu einu? Nkwegayiriree, tombonerezia. 29Kubanga yalagiire dayimooni okuva ku muntu oyo. Kubanga Yabbaire Yaakamala ebiseera bingi nga amukwaite: yasibibwanga mu njegere no mu masamba ng'akuumibwa; n'akutulanga ebyamusibire, dayimooni n'amusengereryanga mu idungu.30Yesu n'amubuulya nti Eriina lyo niiwe ani? N'akoba nti Liigyoni; kubanga dayimooni bangi abaamuyingiiremu. 31Ne bamwegayirira aleke okubalagira okuvaaku okwaba mu bwina.32Awo wabbairewo eigana ly'embizi nyingi nga girya ku lusozi, ne bamwegayirira abalagire bagiyingiremu. N'abalagira. 33Awo badayimooni ne bava ku muntu ne bayingira mu mbizi: eigana ne lifubutukira mu ibbanga ne gigwa mu nyanza ne gifa amaizi.34Awo abasumba bwe bababoine ebibbairewo ne bairuka ne babitumula mu kibuga ne mu byalo. 35Abantu ne bavaayo okubona ebibbairewo; ne baiza eri Yesu ne babona omuntu oyo eyaviireku badayimooni ng'atyaime awali ebigere bya Yesu, ng'avaire olugoye, ng'okutegeera kwe kumwiriremu: ne batya:36Boona ababoine ne bakobera bwe yakoleibwe oyo eyabbaire akwatiibwe badayimooni. 37N'abantu bonabona ab'ensi y'Abagerasene eriraanyeewo ne bamwegayirira ave gye bali, kubanga okutya bungi bwabbaire kubakwaite: awo n'asaabala mu lyato n'airayo.38Naye omuntu eyaviiku badayimooni n'amwegayirira abbe naye; naye n'amuseebula ng'akoba nti 39Irayo mu nyumba yo, onyonyole ebigambo Katonda by'akukoleire bwe biri ebikulu. N'ayaba ng'abuulira ekibuga kyonakyona bwe biri ebikulu Yesu bye yamukoleire.40Awo Yesu bwe yayirire, ekibiina ne kimusangalira n'eisanyu; kubanga bonabona baabbaire nga bamulindiriire. 41Kale, bona, omuntu eriina lye Yayiro omukulu w'eikuŋaaniro n'aiza n'agwa awali ebigere bya Yesu n'amwegayirira okuyingira mu nyumba ye: 42kubanga yabbaire no muwala we eyazaaliibwe omumu nga yaakamala emyaka ikumi n'eibiri, era oyo yabbaire ng'ayaba kufa. Naye bwe yabbaire ng'ayaba ebibiina ne bimunyigirirya.43N'omukali eyabbaire alwaire ekikulukuto ky'omusaayi emyaka ikumi n'eibiri, eyawanga abasawo ebintu bye byonabyona n'atasobola kuwonyezebwa muntu yenayena, 44oyo n'amufuluma enyuma n'akwata ku lukugiro lw'olugoye lwe: amangu ago ekikulukuto kye ne kikala.45Yesu n'akoba nti Yani ankwaiteku? Awo bwe beegaine bonabona, Peetero na bainaye ne bakoba nti Mukama waisu, ebibiina bikwetooloire bikunyigirirya. 46Naye Yesu n'akoba nti Omuntu ankwaiteku: kubanga mpuliire ng'amaani ganviiremu.47Awo omukali oyo bwe yaboine nga tagisiibwe, n'aiza ng'atengera n'amufukaamirira n'amukobera mu maiso g'abantu bonabona ensonga bw'eri emukwatisiryeku, no bw'awonere amangu ago. 48N'amukoba nti Mwana wange, okwikirirya kwo kukuwonyerye; yaba mirembe.49Awo yabbaire akaali atumula, ne waiza omuntu eyaviire mu nyumba y'omukulu w'eikuŋaaniro ng'akoba nti Omuwala wo afiire; toteganya Omwegeresya. 50Naye Yesu bwe yawuliire n'amwiramu nti Totya: ikiirirya bwikiriryi yabba mulamu.51Awo bwe yatuukire ku nnyumba n'ataganya muntu gondi kuyingira naye wabula Peetero no Yokaana n Yakobo no itaaye w'omuwala no maye. 52Awo baabbaire nga bakunga bonabona, nga bamulirira; iye n'akoba nti Temukunga, kubanga tafiiree, naye agonere ndoolo. 53Ne bamusekerera inu, kubanga baamanyire ng'afiire.54Iye n'amukwata ku mukono n'atumurira waigulu ng'akoba nti Omuwala, golokoka. 55Omwoyo gwe ne gwira n'ayemerera amangu ago. N'alagira okumuwa eky'okulya. 56Abazairee be ne bawuniikirira; naye iye n'abakuutira baleke kukoberaku muntu ebibbairewo.
1N'abeetera wamu abayigirizwa be eikumi n'ababiri n'abawa amaani n'obuyinza ku badayimooni bonabona n'okuwonya endwaire. 2N'abatuma okubuulira obwakabaka bwa Katonda, n'okuwonya abalwaire.3N'abakoba nti Temutwala kintu kyo mu ngira, waire omwigo, waire olukoba, waire emere, waire feeza; so temubba ne kanzo eibiri. 4Na buli nyumba mwe muyingiranga, mubbenga omwo, era mwe mubba muvanga.5Era bonabona abatabaikiriryenga, bwe mubbanga muva mu kibuga ekyo, enfuufu ey'omu bigere byanyu mugikunkumulenga ebbe omujulizi eri bo. 6Awo ne baaba ne beetooloola mu bibuga byonabyona nga babuulira enjiri, nga bawonya abantu mu buli kifo.7Awo kabaka Kerode owessaza n'awulira byonabyona ebyakoleibwe; n'abuusabuusa inu kubanga abantu bakobere nti Yokaana azuukiiree mu bafu; 8abandi nti Eriya abonekere; n'abandi nti Banabbi ab'eira omumu ku ibo azuukiire. 9Kerode n'akoba nti Yokaana niinze namutemaku omutwe: naye oyo yani gwe mpuliraku ebigambo ebyekankana awo? N'ataka okumubona.10Awo abatume bwe baamalire okwira, ne bamunyonyola byonabyona bye baakolere. N'abatwala ne yeeyawula n'ayaba nabo kyama mu kibuga ekyetebwa Besusayida. 11Naye ebibiina bwe bategeire ne bamusengererya; n'abasangalira, n'atumula nabo ebigambo by'obwakabaka bwa Katonda, n'ababbaire beetaaga okuwonyezebwa n'abawonya.12Awo eisana ky'abbaire ligwa; abo eikumi n'ababiri ne baiza w'ali ne bamukoba nti Siibula ekibiina baabe mu mbuga no mu byalo eby'okumpi bagone, basagire eby'okulya; kubanga wano tuli mu itale lyereere. 13N'abakoba nti Imwe mubawe eby'okulya. Ne bakoba nti Tubula kintu wabula emigaati itaanu n'ebyenyanza bibiri; kyonka twabe tubagulire eby'okulya abantu bano bonabona. 14Kubanga baali abasajja ng'enkumi itaanu. N'akoba abayigirizwa be nti Mubatyamisye nyiriri ng'aotaanu itaanu.15Ne bakola batyo, ne babatyamisya bonabona. 16N'akwata emigaati eitaanu n'ebyenyanza ebibiri, n'ayimusia amaiso mu igulu, n'abwebalya n'abimenyamu, n'awa abayigirizwa be okubuteeka mu maiso g'ekibiina. 17Ne balya ne baikuta bonabona; ne bulondebwa obukunkumuka bwe baalemerwe, ebiibo ikumi na bibiri.18Awo olwatuukire bwe yabbaire ng'asaba yenka, abayigirizwa be babbaire naye wamu. N'ababuulya ng'akoba nti Ebibiina binjeta yani? 19Ne bairamu ne bakoba nti Yokaana Omubatiza; naye abandi nti Eriya; n'abandi nti Ku banabbi ab'eira omumu ku abo azuukiire.20N'abagamba nti Naye imwe munjeta yani? Peetero n'airamu n'akoba nti niiwe Kristo wa Katonda. 21Naye n'abakuutira n'abalagira baleke okukoberaku omuntu ekigambo ekyo; 22ng'akoba nti Kigwanira Omwana w'omuntu okubonyaabonyezebwa ebingi, n'okugaanibwa abakaire na bakabona abakulu n'abawandiiki, n'okwitibwa, era ku lunaku olw'okusatu okuzuukizibwa.23N'abakoba bonabona nti Omuntu bw'ataka okunsengererya, yeefiirize yenka, yeetikenga omusalaba gwe buli lunaku, ansengererye. 24Kubanga buli ataka okulokola obulamu bwe alibugotya; naye buli aligotya obulamu bwe ku lwange oyo alibulokola. 25Kubanga kulimugasa ki omuntu okulya ensi yonayona nga yegoterye oba nga yeetundire?26Kubanga buli ankwatirwa ensoni nze n'ebigambo byange, oyo n'Omwana w'omuntu alimukwatirwa ensoni, lw'aliizira mu kitiibwa kye no mu kya Itaaye no mu kya bamalayika abatukuvu. 27Naye mbakoba mazima nti Waliwo abayemereire wano abatalirega ku kufa okutuusia lwe balibona obwakabaka bwa Katonda.28Awo olwatuukire oluvanyuma lw'ebigambo ebyo nga wabitirewo enaku munaana, n'atwala Peetero no Yokaana no Yakobo, n'aniina ku lusozi okusaba. 29Awo bwe yabbaire ng'asaba, ekifaananyi ky'amaiso ge ne kibba kindi, n'ekivaalo kye ne kibba kyeru nga kimasiamasia.30Kale, bona abantu babiri ne batumula naye, abo baabbaire Musa no Eriya; 31ababonekere nga balina ekitiibwa, ne batumula ku kufa kwe kw'ayaba okutuukirirya mu Yerusaalemi.32Awo Peetero ne be yabbaire nabo baabbaire bakwatiibwe endoolo: naye bwe bamogere, ne babona ekitiibwa kye n'abantu ababiri abayemereire w'ali. 33Awo olwatuukire bwe baabbaire baaba okwawukana naye, Peetero n'akoba Yesu nti Mukama wange, kisa ife okubba wano; tukole ebigangu bisatu, ekimu kikyo, ekimu kya Musa, ekimu kya Eriya; nga tamaite ky'atumula.34Awo yabbaire ng'akaali atumula ebyo, ekireri ne kiiza ne kibasiikirizia: bwe baayingire mu kireri ne batya. 35Eddoboozi ne lifuluma mu kireri ne likoba nti Oyo niiye Mwana wange gwe neerobozere: mumuwulire iye. 36N'eidoboozi eryo bwe lyaizire, Yesu n'aboneka yenka. Boona ne basirika busiriki, enaku egyo ne batakoberaku muntu kigambo ne kimu ku ebyo bye baboine.37Awo olwatuukire ku lunaku olw'okubiri bwe baaviire ku lusozi, ekibiina kinene ne kimusisinkana. 38Era, bona, omuntu ow'omu kibiina n'atumulira waigulu n'akoba nti Omwegeresya, nkwegayirira okubona ku mwana wange, kubanga namuzaire mumu: 39era, bona, dayimooni amukwata n'akunga amangu ago; n'amutaagula n'okubbimba n'abbimba eiyovu, era amuvaaku lwe mpaka, nga amumenyeremenyere inu. 40Nzeena neegayirire abayigirizwa bo okumubbingaku; ne batasobola.41Yesu n'airamu n'akoba nti Imwe ab'emirembe egitaikirirya era egyakyamire, ndituusia wa okubba naimwe n'okubagumiinkiriza? leeta wano omwana wo. 42Awo yabbaire ng'akaali atumula, dayimooni n'amusuula n'amutaagula inu. Naye Yesu n'abogolera dayimooni n'awonya omulenzi n'amwirya eri Itaaye.43Bonabona ne bawuniikirira olw'obukulu bwa Katonda. Naye bonabona bwe baabbaire nga beewuunya byonabyona bye yakolere, n'akoba abayigirizwa be nti 44Ebigambo ebyo mubiteeke mu matu ganyu: kubanga Omwana w'omuntu agayaba okuweebwayo mu mikono gy'abantu. 45Naye ibo ne batategeera kigambo ekyo, era kyabbaire kibagisiibwe baleke okukitegeera : ne batya okumubuulya ekigambo ekyo bwe kiri.46Awo ne wabbaawo okuwakana mu ibo alibba omukulu mu ibo bw'ali. 47Naye Yesu bwe yaboine okuwakana mu myoyo gyabwe, n'atwala omwana omutomuto, n'amuteeka ku lusegere lwe, 48n'abakoba nti Buli anaasembelyanga omwana omutomuto ono mu liina lyange, ng'asembeirye nze, na buli eyasembezanga nze, ng'asembeirye eyantumire: kubanga asinga obutobuto mu imwe mwenamwena oyo niiye mukulu.49Yokaana n'airamu n'agamba nti Mukama waisu, twaboine omuntu ng'abbinga dayimooni mu liina lyo: ne tumugaana, kubanga tabita naife. 50Naye Yesu n'amukoba nti Temumugaana; kubanga atali mulabe wanyu, ali ku lwanyu.51Awo olwatuukire enaku gye egy'okutwalibwa waigulu bwe gyabbaire giri kumpi okutuuka, n'asimbira dala amaiso ge okwaba e Yerusaalemi, 52n'atuma ababaka mu maiso ge; ne baaba ne bayingira mu mbuga y'Abasamaliya, okumutegekera. 53Ne batamusemberya kubanga amaiso ge gabbaire galagire kwaba Yerusaalemi.54Abayigirizwa be Yakobo ni Yokaana bwe baboine ne bakoba nti Mukama waisu, otaka ndagire omusyo guve mu igulu okubazikirizya, nga Eriya bwe yakolere? 55Naye n'akyuka n'abanenya n'atumula nti Temumaite omwoyo bwe guli gwe mulina. Kubanga Omwana w'omuntu teyaizire kuzikirizia bulamu bwa bantu, wabula okubulokola. 56Awo ne baaba mu mbuga egendi.57Awo bwe baabbaire nga baaba mungira, omuntu n'amukoba nti Nakusengereryanga gyewaybanga wonawona. 58Yesu n'amukoba nti Ebibbe birina obwina, n'enyonyi egy'omu Ibbanga girina ebisu, naye Omwana w'omuntu abula w'ateka mutwe gwe.59N'akoba ogondi nti Nsengererya. Naye iye n'akoba nti Mukama wange, ndeka male okwaba okuziika Itawange. 60Naye n'amukoba nti Leka abafu baziike abafu baabwe, naye iwe yaba obuulire obwakabaka bwa Katonda.61N'ogondi n'akoba nti Nakusengereryanga, Mukama wange; naye sooka ondeke male okusebubula ab'omu nyumba yange. 62Naye Yesu n'amukoba nti Wabula muntu akwata ekyoma ekirima n'alinga enyuma asaanira obwakabaka bwa Katonda.
1Awo oluvannyuma lw'ebyo Mukama waisu n'alonda abandi nsanvu, n'abatuma babiri babiri mu maiso ge okwaba mu buli kibuga na buli kifo gy'ayaba okwiza iye. 2N'abakoba nti Okukungula niikwo kungi, naye abakunguli niibo batono: kale musabe Mukama w'okukungula okutuma abakunguli mu kukungula kwe.3Mwabe: bona, mbatuma imwe ng'abaana b'entama wakati mu misege. 4Temutwala nsawo, waire olukoba, waire engaito; so temusugisugirya muntu mu ngira.5Na buli nyumba gye muyingirangamu, musookenga okukoba nti Emirembe gibbe mu nyumba muno. 6Oba nga mulimu omwana w'emirembe emirembe gyanyu gyabbanga ku iye; naye oba nga ti kityo, ate gyayabanga gye muli. 7Mubbenga mu nyumba omwo nga mulya nga munywa eby'ewaabwe, kubanga omukozi w'omulimu asaanira empeera ye. Temuvanga mu nyumba eimu okuyingira mu gendi.8Na buli kibuga kye mutuukangamu, ne babasemberya, mulyanga buli bye basanga mu maiso ganyu; 9muwonyenga abalwaire abalimu, mubakobenga nti Obwakabaka bwa Katonda bubasembereire kumpi.10Naye buli kibuga kye mutuukangamu ne batabasemberya, mufulumanga mu nguudo gyakyo, mukobanga nti 11N'enfuufu ey'omu kibuga kyanyu, etusaabaanire mu bigere, tugibakunkumulira imwe; naye mutegeere kino ng'obwakabaka bwa Katonda busembeire. 12Mbakoba imwe nti Sodomu eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiinkirizikika ku lunaku ludi okusinga ekibuga ekyo.13Gikusangire, Kolaziini! gikusangire, Besusayida kubanga, eby'amaani ebyakoleibwe ewanyu singa byakoleibwe Tuulo n'e Sidoni, singa beenenyere ira nga batyaime mu bibukutu n'eikoke. 14Naye Tuulo ne Sidoni biribba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiinkirizika ku lunaku olw'omusango, okusinga imwe. 15Weena Kaperunawumu, oligulumizibwa okutuuka mu igulu? oliikibwa okutuuka e Magombe.16Abawulira imwe, ng'awulira nze; era anyooma imwe ng'anyooma nze; n'oyo anyooma nze ng'anyooma eyantumire.17Awo abo ensanvu ne baira n'eisanyu nga bakoba nti Mukama waisu, na badayimooni batuwulira mu liina lyo. 18N'abakoba nti Naboine Setaani ng'aviire mu igulu okugwa ng'okumyansia. 19Bona, mbawaire obuyinza obw'okuniinanga ku misota n'enjaba egy'obusagwa, n'amaani gonagona ag'omulabe: so wabula kintu ekyabakolanga obubbiibi n'akatono 20Naye ekyo temukisanyukira, kubanga badayimooni babawulira; naye musanyuke kubanga amaina ganyu gawandiikiibwe mu igulu.21Awo mu saawa eyo n'asanyukira mu Mwoyo Omutukuvu n'agamba nti Nkwebalya, Kitange, Mukama w'eigulu n'ensi, kubanga bino wabigisire abagezi n'abakabakaba, n'obibikkulira abaana abatobato: niiwo awo, Itawange; kubanga bwe kyasiimiibwe kityo mu maiso go.22Byonabyona byampeweibwe Itawange; wabula muntu amaite Omwana bw'ali, wabula Itawaisu; waire Itawaisu bw'ali, wabula Omwana, n'oyo Omwana gw'ataka okumubikulira.23N'akyukira abayigirizwa be n'abakoba kyama nti Galina omukisa amaiso agabona bye mubona: 24kubanga mbakoba nti Banabbi bangi na bakabaka batakanga okubona bye mubona imwe, ne batabibona; n'okuwulira bye muwulira ne batabiwulira.25Kale, bona, omwegeresya w'amateeka n'ayemerera ng'amukema ng'akoba nti Omwegeresya, nkolenga ki okusikira obulamu obutawaawo? 26N'amukoba nti Kyawandiikiibwe kitya mu mateeka? Osoma otya? 27N'airamu n'akoba nti Takanga Mukama Katonda wo n'omwoyo gwo gwonagwona, n'emeeme yo yonayona, n'amaani go gonagona, n'amagezi go gonagona; no muliraanwa wo nga iwe bwe wetaka wenka. 28N'amukoba nti Oiriremu kusa; kola otyo, wabbbanga n'obulamu.29Naye iye obutataka kuwangulikika, n'akoba Yesu nti Muliraanwa wange niiye ani? 30Yesu n'airamu n'akoba nti Waaliwo omuntu eyabbaire ava e Yerusaalemi ng'aserengeta e Yeriko; n'agwa mu batemu, ne bamwambula, ne bamukubba emiigo, ne baaba ne bamuleka ng'abulaku katono okufa.31Awo kabona yabbaire ng'aserengetera inu ngira eyo nga tamanyiriiree; kale bwe yamuboine, n'amwebalama n'abitawo. 32N'Omuleevi atyo bwe yatuukire mu kifo ekyo, n'amubona, n'amwebalama n'abitawo.33Naye Omusamaliya bwe yabbaire ng'atambula, n'aiza w'ali: awo bwe yamuboine n'amukwatirwa ekisa, 34n'amusemberera, n'amusiba ebiwundu bye, ng'afukamu amafuta n'omwenge; n'amuteeka ku nsolo ye, n'amuleeta mu kisulo ky'abageni, n'amwijanjaba. 35Awo bwe bwakyeire amakeeri n'atoola edinaali ibiri, n'agiwa mwene we nyumba n'amukiba nti Mujanjabe; n'ekintu kyonakyona ky'oliwaayo okusukawo, bwe ndiira ndikusasula.36Kale olowooza otya, aliwa ku abo abasatu, eyabbaire muliraanwa w'oyo eyagwire mu batemu? 37N'akoba nti odi eyamukoleire eby'ekisa.Yesu n'amukoba nti weena yaba okole otyo.38Awo bwe babbaire baaba, n'ayingira mu kyalo: omukali eriina lye Maliza n'amusemberya mu nyumba ye. 39Naye yabbaire no mugande ayetebwa Malyamu, eyatyamanga awali ebigere bya Mukama waisu n'awuliranga ekigambo kye.40Naye Maliza yabbanga n'emitawaana egy'okuweererya okungi; n'aiza w'ali, n'amukoba nti Mukama wange, tofaayo nga mugande wange andekere okuweererya nzenka? kale mukobe anyambe. 41Naye Mukama waisu n'airamu n'amukoba nti Maliza, Maliza, weeraliikirira, olina emitawaana egy'ebigambo bingi; 42naye ekyetaagibwa kiri kimu: kubanga Malyamu alonderewo omugabo ogwo omusa ogutalimutoolebwaku.
1Awo olwatuukire bwe yabbaire ng'ali mu kifo ng'asaba, bwe yamalire, ku bayigirizwa be omumu n'amukoba nti Mukama waisu, twegeresye okusaba, era nga Yokaana bwe yayegeresyanga abayigirizwa be.2N'abakoba nti Bwe musabanga, mukobanga nti Itawaisu, Eriina lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bwize.3Otuwenga buli lunaku emere yaisu ey'olunaku. 4Era otusonyiwe ebyonoono byaisu; kubanga feena tumusonyiwa buli gwe tubanja. So totutwala mu kukemebwa.5N'abakoba nti Yani ku imwe alina ow'omukwanu alyaaba ewuwe eitumbi, n'amukoba nti Mukwanu gwange, mpola emigaati isatu; 6kubanga mukwanu gwange aizire, ava mu lugendo, nzeena mbula kya kuteeka mu maiso ge; 7n'odi ali mulati n'amwiramu n'akoba nti Tonteganya; atyanu olwigi lwigale, abaana bange nanze tumalire okugona, tinsobola kugolokoka kukuwa? 8Mbakoba nti waire nga tagolokoka n'amuwa kubanga mukwanu gwe, naye olw'okumulemeraku kwe yagolokoka n'amuwa byonabyona bye yeetaaga.9Nzeena mbakoba imwe nti Musabe, muliweebwa; musagire, mulibona; mweyanjule, muliigulirwawo. 10Kubanga buli muntu yenayena asaba aweebwa; n'asagira abona; n'eyeeyanjula aliigulirwawo.11Era yani ku imwe itaaye w'omuntu omwana we bw'alimusaba omugaati, alimuwa eibbaale? oba ekyenyanza, n'amuwa omusota mu kifo ky'ekyenyanza? 12Oba bw'alisaba eigi, n'amuwa enjaba? 13Kale oba nga imwe ababbiibi mumaite okuwa abaana banyu ebirabo ebisa, talisinga inu Itawanyu ali mu igulu okuwa Omwoyo Omutukuvu abamusaba.14Yabbaire ng'abbinga dayimooni omusiru. Awo dayimooni bwe yamuviireku, kasiru n'atumula, ebibiina ne byewuunya. 15Naye abamu ne bakoba nti Abbinga dayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu we dayimooni.16N'ababona, ne bamutakirya akabonero akava mu igulu, nga bamukema. 17Naye iye, bwe yamanyire bye balowooza, n'abakoba nti Buli bwakabaka bwonabwona bwe bwawukanamu ibwo bwonka buzikirira; n'enyumba bw'eyawukanamu enyumba eyo egwa.18No Setaani bw'ayawukanamu iye yenka, obwakabaka bwe bulyemererawo butya? kubanga mukoba nti mbiinga dayimooni ku bwa Beeruzebuli. 19Era oba nga nze mbiinga dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana banyu bagibbinga ku bw'ani? kyebaliva babba abalamuzi banyu. 20Naye bwe mba mbingisya dayimooni engalo ya Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubaiziire.21Omuntu ow'amaani ng'alina ebyokulwanisa bw'akuuma oluya lwe, ebintu bye bibba mirembe: 22naye amusinga amaani bw'amwiziira n'amuwangula, amutoolaku ebyokulwanisya bye byonabyona bye yeesiga, n'agaba ebintu bye. 23Atabba nanze niiye mulabe wange; era atakuŋaanyirya wamu nanze asaansaanya.24Dayimooni bw'ava ku muntu, abita mu bifo ebibulamu maizi ng'asagira aw'okuwumulira; bw'abulwa akoba nti Ka ngireyo mu nyumba yange mwe naviire. 25Bw'aiza, agibona ng'eyereibwe etimbiibwe. 26Kale ayaba, n'aleeta badayimooni abandi musanvu, ababbiibi okumusinga iye, ne bayingira ne babba omwo: kale eby'oluvanyuma eby'omuntu oyo bibba bibbiibi okusinga eby'oluberyeberye.27Awo olwatuukire ng'atumula ebyo, omukali ow'omu kibiina n'ayimusia eidoboozi lye n'amukoba nti kirina omukisa ekida olwakuzaire n'amabeere ge wayonkereku. 28Naye iye n'akoba nti Ekisinga, balina omukisa abawulira ekigambo kya Katonda, ne bakyekuuma.29Awo ebibiina bwe byabbaire nga bikuŋaanira w'ali, n'atanula okukoba nti Emirembe gino mirembe mibbiibi: gisagira akabonero, so tegiriweebwa kabonero wabula akabonero ka Yona. 30Kuba Yona nga bwe yabbaire akabonero eri ab'e Nineevi, atyo n'Omwana w'omuntu bw'alibba eri emirembe gino.31Kabaka omukali ow'okuluda omuliiro alyemerera mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, alibasingisya omusango: kubanga yaviire ku nkomerero gy'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, bona, asinga Sulemaani ali wanu.32Abantu ab'e Nineevi balyemerera mu musango wamu n'emirembe gino, baligisingisya omusango: kubanga beenenya olw'okubuulira kwa Yona; era, laba, asinga Yona ali wanu.33Wabula akwatisya etabaaza n'agiteeka mu bwina, oba mukati mu kiibo, wabula ku kikondo, abayingira babone bw'eyaka. 34Etabaaza y'omubiri gwo niiryo eriiso lyo; eriiso lyo bwe ribona okusa, n'omubiri gwo gwonagwona gubba gwizwire omusana; naye bwe libba ebbiibi, n'omubiri gwo nga gwizwire endikirirya. 35Kale weekuumenga omusana ogukulimu gulekenga okubba endikirirya. 36Kale omubiri gwo gwonagwona bwe gwizula omusana, nga gubula kitundu kimu kya kyendikirirya, gwonagwona guliizula musana ng'etabaaza bw'ekumulisirya n'okutangaala kwayo.37Awo bwe yabbaire ng'atumula, Omufalisaayo n'amweta okulya emere ewuwe: n'ayingira n'atyama ku mere. 38Omufalisaayo bwe yaboine, ne yeewuunya kubanga tasookere kunaaba nga akaali kulya.39Mukama waisu n'amukoba nti Imwe Abafalisaayo munaabya kungulu w'ekikompe n'ow'ekibya; naye munda mwanyu mwizwire obunyazi n'obubi. 40Imwe abasiru, oyo eyakolere kungulu ti niiye yakolere no mukati? 41Naye ebiri mukati mubiwengayo okubba eby'okusaasira; era, bona, byonabyona birongoofu gye muli.42Naye gibasangire imwe, Abafalisaayo kubanga muwa ekitundu eky'eikumi ekya nabbugira n'akakubbansuna n'eiva lyonalyona, naye omusango n'okutaka Katonda mubibita kumbali: ebyo kibagwaniire okubikolanga, na biri obutabirekangayo43Gibasangire imwe, Abafalisaayo! kubanga mutaka entebe egy'omumaiso mu makuŋaaniro n'okugiribwa mu butale. 44Gibasangire! kubanga mufaanana amalaalo agataboneka, abantu ge batambuliraku nga tebagamaite.45Awo omumu ku begeresya b'amateeka n'airamu n'amukoba nti Omwegeresya, bw'okoba otyo ovuma feena. 46N'akoba nti Mweena, abegeresya b'amateeka, Gibasangire! kubanga mutiika abantu emigugu egiteetikika, imwe beene gye mutataka kukwataku na lugalo lwanyu.47Gibasangire! kubanga muzimba amalaalo ga banabbi, naye bazeiza banyu niibo baabaitire. 48Mutyo muli bajulizi era musiima ebikolwa bya bazeiza banyu: kubanga ibo babatire, mweena muzimba amalaalo gaabwe.49N'amagezi ga Katonda kyegaava gakoba nti Ndibatumira banabbi n'abatume; abamu ku ibo balibaita balibayiganya; 50omusaayi gwa banabbi bonabona, ogwayiikikire okuva ku kutondebwa kw'ensi, gubuulibwe eri emirembe gino; 51okuva ku musaayi gwa Abbeeri okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyatiirwe wakati w'ekyoto ne yeekaalu: mazima mbakoba imwe nti Gulibuuzibwa eri emirembe gino.52Zibasangire imwe, abegeresya b'amateeka! Kubanga mwatwaire ekisulumuzo eky'okutegeera: niimwe beene temwayingiire, n'abaadi abayingira mwabaziyizirye.53Awo bwe yaviireyo, Abawandiiki n'Abafalisaayo ne batandi okumuteganya inu n'okumukemerelya ebigambo bingi; 54nga bamutega, okutega ekigambo ekyaava mu munwa gwe, balyoke bamuwaabire.
1Mu biseera ebyo abantu b'ekibiina emitwalo n'emitwalo bwe baabbaire bakuŋaanire n'okuniinagana nga baniinagana, n'asookera ku bayigirizwa be okubakoba nti Mwekuumenga ekizimbulukusya eky'Abafalisaayo, niibwo bunanfuusi.2Naye wabula ekyabikkiibwe ekitalibikulwa; waire ekyakisiibwe ekitalitegeerwa. 3Kale byonabyona bye mwabbaire mutumwire mu mundikirirya biriwulirirwa mu musana; n'ekyo kye mwabbaire mutumuliire mu kitu mu bisenge kiribuulibwa ku kasulya k'enyumba.4Era mbakoba imwe, mikwanu gyange, nti Temutyanga abo abaita omubiri, oluyanyuma ababula kigambo kyo kukola ekisingawo. 5Naye naabalabula gwe mwaatyanga: Mutyenga oyo, bw'amala okwita alina obuyinza okusuula mu Geyeena, niiwo awo, mbakoba nti Oyo gwe mubbe mutyenga.6Enkalyaluya eitaano tebagitundamu mapeesa mabiri? naye wabula n'eimu ku egyo eyerabiwa mu maiso ga Katonda. 7Naye n'enziiri egy'oku mitwe gyanyu zibaliibwe gyonagyona. Temutyanga: imwe musinga enkazaluya enyingi.8Era mbakoba nti Buli alinjatulira mu maiso g'abantu, oyo Omwana w'omuntu yeena alimwatulira mu maiso ga bamalayika ba Katonda; 9naye aneegaanira mu maiso g'abantu alyegaanirwa mu maiso ga bamalayika ba Katonda. 10Na buli muntu ayogera ekigambo ku Mwana w'omuntu kirimusonyiyibwa: naye oyo avoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa.11Era bwe babaleetanga mu makuŋaaniro n'eri abaamasaza, n'abalina obuyinza, temweraliikiriranga bwe mwiramu oba kye mwairamu oba kye mwatumula; 12kubanga Omwoyo Omutukuvu yabegeresyanga mu kiseera ekyo ebibagwaniire okutmula.13Awo omuntu ow'omu kibiina n'amukoba nti Omwegeresya, koba mugande wange agabane nanze eby'obusika bwaisi. 14Naye iye n'amukoba nti Omuntu, yani eyanteekerewo okubba omulamuzi oba omugabi wanyu? 15N'abagamba nti Mumoge, mwekuumenga okwegomba kwonakwona; kubanga obulamu bw'omuntu sti by'ebintu ebingi by'abba nabyo.16N'abagerera olugero ng'akoba nti Wabbairewo omuntu omugaiga, enimiro ye n'ebalya: 17n'alowooza mukati mu iye ng'akoba nti Nakola ntya, kubanga mbula we naakuŋaanyirya bibala byange? 18N'akoba nti Nakola nti: naamenya ebideero gange ne nzimba ebindi ebisinga obunene; ne nkuŋaanyirya omwo emere yange enkalu yonayona n'ebintu byange. 19Ndikoba emeeme yange nti Emeeme, olina ebintu bingi ebigisiibwe eby'emyaka emingi; wumula, olye, onywe, osanyuke.20Naye Katonda n'amukoba nti Musiru iwe, mu bwire buno emeeme yo bagikutoolaku; kale ebintu by'otegekere byabba by'ani? 21Atyo bw'ali eyeeterekera obugaiga, so nga ti mugaiga eri Katonda.22N'akoba abayigirizwa be nti Kyenva mbakoba nti Temweraliikiriranga bulamu bwanyu, kye mwalya; waire emibiri gyanyu, kye mwavaala. 23Kubanga obulamu businga emere, n'omubiri gusinga ebyokuvaala.24Mulowooze banamuŋoona, bwe batasiga so tebakungula; ababula bideero, waire ebigisiro; era Katonda abaliisya; imwe temusinga enyonyi mirundi mingi? 25Yani ku imwe bwe yeeraliikirira asobola okwongera ku bukulu bwe omukono ogumu? 26Kale bwe mutasobola ekisinga obutono, kiki ekibeeraliikirirya ebindi?27Mubone amalanga bwe gamera: tegakola mulimu so tegalanga lugoye; naye mbakoba nti No Sulemaani mu kitiibwa kye kyonakyona teyavaalanga ng'erimu ku igo. 28Naye Katonda bw'avaalisya atyo omudo ogw'oku itale, ogubbaawo atyanu, eizo nga bagusuula ku kikoomi; talisinga inu okuvaliisya imwe, abalina okwikirirya okutono?29Mweena temusagiranga kye mwalya oba kye mwanywa, so temubbanga na myoyo egibuusabuusa. 30Kubanga ebintu ebyo byonabyona bisagiribwa amawanga ag'ensi: naye Itwanyu amaite nga mwetaaga ebyo.31Naye musagire obwakabaka bwe, n'ebintu ebyo mulibyongerwaku. 32Totyanga, iwe ekisibo ekitono; kubanga Itawanyu asiima okubawa imwe obwakabaka.33Mumogenga bye muli nabyo, muwengayo eby'okusaasira; mwetungirenga ensawo egitakairiwa, obugaiga obutawaawo mu igulu; omubbiibi gy'atasembera, n'enyenje gye gitayonoonera. 34Kubanga obugaiga bwanyu gye buli, n'emyoyo gyanyu gye gibba.35Mwesibenga emisipi mu nkende gyanyu, n'etabaaza zanyu nga gyaka; 36mweena beene mubbenga ng'abantu abalindirira mukama waabwe, w'alirira ng'ava ku mbaga ey'obugole; bw'aliiza n'akoona ku lwigi, bamwigulirewo amangu ago.37Balina omukisa abaidu abo, mukama waabwe bw'aliiza b'alisanga nga bamoga; mazima mbakoba ng'alyesiba n'abatyamisya ku mere, n'aiza n'abaweereza. 38Awo bw'aliiza mu kisisimuko eky'okubiri, oba mu ky'okusatu, n'abasanga atyo, balina omukisa abaidu abo.39Naye mutegeere kino, nga mwene we nyumba singa amanya ekiseera omubbiibi w'eyaizira, yakamogere, teyandirekere nyumba ye kusimibwa. 40Mweena mwegisirenga: kubanga Omwana w'omuntu aizira mu kiseera mwe mutalowoozerya.41Peetero n'akoba nti Mukama waisu, olugero luno olugereire niife oba bonabona? 42Mukama waisu n'akoba nti Kale yani oyo omuwanika omwesigwa ow'amagezi, mukama we gw'alisigira ab'omu nyumba ye, okubagabiranga omugabo gwabwe ogw'emere mu kiseera kyayo? 43Alina omukisa omwidu oyo mukama we bw'aliiza gw'alisanga ng'akola atyo. 44Mazima mbakoba ng'alimusigira byonabyona by'ali nabyo.45Naye omwidu oyo bw'alitumula mu mwoyo gwe nti Mukama wange alwiire okwiza; n'atandika okukubba abaidu n'abazaana, n'okulya n'okunywa n'okutamiira; 46kale mukama w'omwidu oyo aliiza ku lunaku lw'atamulowoozeryaku, ne mu kiseera ky'atamaite, alimutemaatema alimuwa omugabo gwe wamu n'abataikirirya47N'omwidu oyo eyamanyire mukama we kye yatakire, n'atategeka n'atatuukirirya kye yayatakire, alikubbibwa mingi; 48naye ataamanyire n'akola ebisaaniire okumukubbya, alikubbibwa mitono; na buli eyaweweibwe ebingi, alisagiribwaku bingi; n'oyo gwe bagisisirye ebingi, gwe balisinga okubuulya ebingi.49Naizire kusuula musyo ku nsi; gwoona oba nga atyanu gwaka, ntaka ki? 50Naye ndina okubatizibwa kwe ndibatizibwa; nzeena nga mbonaabona okutuusya lwe kulituukirizibwa!51Mulowooza nti naizire kuleeta mirembe ku nsi? Mbakoba nti Bbe; wabula okwawukana obwawukani; 52kubanga okutandika atyanu walibbaawo bataano mu nyumba eimu nga baawukaine, abasatu n'ababiri, era ababiri n'abasatu. 53Balyawukana, itaaye n'omwana we, era omwana no itaaye; maye no muwala we, era omuwala no maye; era nazaala no muk'omwana we, era muk'omwana we no nazaala we.54N'akoba ebibiina byoona nti Bwe mubona ekireri nga kyekuluumulula ebugwaisana, amangu ago mukoba nti amaizi gatonya; era bwe kibba kityo. 55Bwe mubona empewo ng'efuluma ku mukino omuliiro mukoba nti Lyabba ibbugumu; era bwe kibba. 56Bananfuusi, mumaite okukebera ekifaananyi ky'ensi n'eigulu; naye kiki ekibaloberya okumanya okukebera obwire buno?57Era mweena mwenka ekibaloberya kiki okusala eby'ensonga? 58Kubanga bw'obba oyaba n'akuloopa eri omulamuzi, onyiikiriranga mu ngira okutabagana n'akuvunaana; aleke okukuwalulira ewa katikkiro, no katikkiro n'akuwa omumbowa, n'omumbowa n'akusuula mu ikomera. 59Nkukoba nti Toliva omwo n'akatono, okutuusya lw'olisasulirira dala buli sente.
1Awo mu biseera ebyo wabbairewo abantu ababbaire bali awo abaamukobeire eby'Abagaliraaya badi, Piraato be yatukobeire omusaayi gwabwe ne sadaaka gyabwe. 2N'airamu n'abakoba nti Mulowooza nga Abagaliraaya abo babbaire boonoonyi okusinga Abagaliraaya bonabona, kubanga baabonyaabonyezebwa batyo? 3Mbakoba nti te kiri kityo: naye bwe muteenenya, mulizikirira mwenamwena mutyo.4Oba badi eikumi n'omunaana, ekigo eky'omu Sirowamu be kyagwireku ne kibaita, mulowooza babbaire bakozi bo bubbiibi okusinga abantu bonabona ababbaire mu Yerusaalemi? 5Mbakoba nti Te kiri kityo: naye bwe muteenenya, mulizikirira mwenamwena inu.6N'atumula olugero luno, nti Waaliwo omuntu eyabbaire no omutiini ogwabbaire gusimbibwe mu lusuku lwe olw'emizabbibu; n'auza ng'agusagiraku ebibala n'atabibona. 7N'akoba omulimi nti Bona, atyanu emyaka isatu nga ngiza okusagira ebibala ku mutiini guno, ne ntabibona; guteme; n'okwemala gwemalira ki ekifo obwereere?8Iye n'airamu n'amukoba nti Mukama wange, guleke mu mwaka guno era, ngutemeretemere, nguteekeku obusa; 9bwe gulibala ebibala oluvannyuma, kisa; naye oba nga te kiri kityo, oligutema.10Awo ku lunaku lwa sabbiiti yabbaire ng'ayegeresya mu limu ku makuŋaaniro. 11Era, bona, omukali eyabbaire yaakalwalira dayimooni ow'obunafu emyaka ikumi n'omunaana; ng'agongobaire nga tayinza kwegolola n'akatono.12Awo Yesu bwe yamuboine, n'amweta n'amukoba nti Omukali, osumulwirwe obulwaire bwo. 13N'amuteekaku emikono, amangu ago n'abba mugolokofu, n'atendereza Katonda. 14Naye omukulu w'eikuŋaaniro bwe yanyiigire kubanga Yesu awonyerye omuntu ku sabbiiti, n'airamu n'akoba ekibiina nti Waliwo enaku omukaaga egigwana okukolerangaku emirimu: kale mukolenga ku egyo okuwonyezebwa, naye ti ku lunaku lwa sabbiiti.15Naye Mukama waisu n'amwiramu n'akoba nti Bananfuusi, buli mumu ku imwe ku lunaku lwa sabbiiti tasumulula nte ye oba ndogoyi ye mu kisibo, n'agitwala okuginywisya? 16Era oyo omwana wa Ibulayimu eyasibiibwe Setaani, bona, emyaka ikumi na munaana, tagwaniire kusumululwa mu busibe obwo ku lunaku lwa sabbiiti?17Awo bwe yabbaire ng'atumula ebyo, abalabe be bonabona ne baswala: n'ekibiina kyonakyona ne basanyukira byonabyona eby'ekitiibwa ebikoleibwe iye.18Kyeyaviire akoba nti Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? era naabufaananya na ki? 19Bufaanana akaweke ka kalidaali, omuntu ke yakwaite n'akasuula mu nimiro ye; ne kakula, ne kabba musaale; enyonyi egy'omu ibbanga ne gityama ku matabi gaagwo.20Ate n'akoba nti Obwakabaka bwa Katonda naabufaananya na ki? 21Bufaanana ekizimbulukusya, omukali kye yakwaite n'akigisa mu biibo bisatu eby'obwita, bwonabwona ne buzimbulukuka.22N'atambula mu bibuga no mu mbuga ng'ayegeresya ng'ayaba e Yerusaalemi. 23Omuntu n'amukoba nti Mukama wange, niibo batono abakoleibwe? Iye n'abakoba nti 24Mufubenga okuyingira mu mulyango omufunda: kubanga mbakoba nti bangi abalisaagira okuyingira, so tebalisobola.25Mweene we nyumba bw'alimala okugolokoka, n'aigalawo olwigi, ne musooka okwemerera ewanza, n'okukonkona ku lwigi, nga mukoba nti Mukama waisu, twigulirewo; kale alibairamu n'abakoba nti Timbamaite gye muva; 26Kaisi ne mutandika okukoba nti Twaliiranga era twanywiranga mu maiso go, era wayigiririzanga mu nguudo gyaisu; 27kale alikoba nti Mbakoba nti timaite gye muva: muve we ndi; mwenamwena abakola ebitali byo butuukirivu.28Eyo eribbaayo okukunga n'okuluma ensaya bwe mulibona Ibulayimu no Isaaka no Yakobo na banabbi bonabona mu bwakabaka bwa Katonda, mweena nga musuuliibwe ewanza. 29Baliiza nga bava ebuvaisana n'ebugwaisana, n'oku Mukono omugooda n'omuliiro, balityama mu bwakabaka bwa Katonda. 30Era, bona, waliwo ab'oluvanyuma abalibba ab'oluberyeberye, era waliwo ab'oluberyeberye abalibba ab'oluvanyuma31Mu kiseera ekyo Abafalisaayo ne baiza, ne bamukoba nti Va wano, weyabire: kubanga Kerode ataka kukwita. 32N'abagamba nti Mwabee mukobe enkeretanyi eyo nti bona, ngoba dayimooni mponya abantu atyanu n'eizo, no ku lunaku olw'okusatu ndituukirizibwa. 33Naye kiŋwanire okutambulaku atyanu n'eizo n'olw'eibiri; kubanga tekisoboka nabbi kizikirira wanza wa Yerusaalemi.34Iwe Yerusaalemi, Yerusaalemi, aita banabbi, akubba amabbaale abatumibwa gy'ali! emirundi imeka nga njantaka okukuŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋaanyirya obwana bw'ayo mu biwawa byayo, so temwaikirirye! 35Bona, enyumba yanyu ebalekeibwe kifulukwa; era mbakoba nti Temulimbona, okutuusya lwe mulikoba nti Aweweibwe omukisa aiza mu liina lya Mukama.
1Awo abawooza bonabona n'ababbaire n'ebibbiibi babbaire nga bamusemberera okumuwulira. 2Abafalisaayo era n'abawandiiki ne beemulugunya, nga bakoba nti Ono asembezia abalina ebibbiibi, era alya nabo. 3N'abagerera olugero luno, ng'akoba nti4Muntu ki ku imwe alina entama ekikumi, bw'abulwaku eimu, ataleka gidi ekyenda mu mwenda ku itale, n'asengererya edi eyagotere, okutuusya lw'aligibona? 5Kale bw'aligibona, agiteeka ku ibega lye ng'asanyuka. 6Bw'atuuka eika, ayeta emikwanu gye na baliraanwa be, n'abakoba nti Munsanyukireku, kubanga nzwire entama yange eyabbaire egotere.7Mbakoba nti kityo lyabbanga isanyu mu igulu olw'oyo alina ebibbiibi omumu eyeenenya, okusinga abatuukirivu ekyenda mu mwenda, abateetaaga kwenenya. 8Oba mukali ki alina empiya ekumi, bw'agoteebwaku empiya imu, atakoleezia tabaaza n'ayera enyumba, n'anyiikira okusagira okutuusya lw'agizuula? 9Bw'agibona, ayeta mikwanu gye na baliraanwa be nakoba nti Munsanyukireku, kubanga nzwire empiya eyabbaire egotere.10Mbakoba nti kityo libba isanyu mu maiso ga bamalayika ba Katonda olw'oyo alina ebibbiibi omumu eyeenenya. 11N'akoba nti Waaliwo omuntu eyabbaire alina abataane babiri:12omutomuto n'akoba itaaye nti Itawange, mpa omugabo gw'ebintu oguŋwaniire. Kale n'abagabira eby'obulamu bwe.13Awo oluvanyuma lw'enaku ti nyingi, oyo omwana omutomuto n'akuŋaanya ebibye byonabyona, n'atambula n'ayaba mu nsi ey'ewala; n'asaansaanyirya eyo ebintu bye mu mpisa embiibi. 14Awo bwe yamalire okubirya byonabyona, enjala nyingi n'egwa mu nsi omwo, n'atandika okudaaga.15N'ayaba ne yeegaita n'omwami ow'omu nsi eyo; oyo n'amusindika mu kyalo kye okuliisyanga embizi. 16Ne yeegombanga okwikuta ebikuta embizzi bye gualyanga: ne watabbaawo muntu amuwa. 17Naye bwe yeiriremu, n'akoba nti Abaweereza bameka ab'empeera aba itawange abaikuta emmere ne balemwa, nzeena nfiira wano enjala!18Naagoloka ne njaba eri itawange, ne mukoba nti itawange, nyonoonere eri eigulu no mu maiso go; 19tinkaali nsaana kwetebwa mwana wo; nfuula ng'omumu ku baweereza bo ab'empeera. 20N'agolokoka n'aiza eri itaaye. Naye yabbaire ng'akaali ali wala, itaaye n'amulengera, n'amusaasira, n'airuka mbiro, n'amugwa mu kifubba, n'amunywegera inu.21Oyo omwana n'amukoba nti Itawange, nyonoonere eri eigulu no mu maiso go; ti nkaali nsaana kwetebwa mwana wo. 22Naye Itaaye n'akoba abaidu be nti Mwabe muleete mangu olugoye olusinga gyonagyona, mulumuvaalisye: mumuteeke empeta ku ngalo, n'engaito mu bigere bye:23muleete n'enyana ensavu, mugiite, tulye, tusanyuke; 24kubanga omwana wange ono yabbaire afwire, azuukiire; yabbaire azawire, azaawukire. Ne batandika okusanyuka.25Naye omwana we omukulu yabbaire mu kyalo; bwe yaizire ng'ali kumpi okutuuka ku nyumba, n'awulira eŋoma n'amakina. 26Ku baidu n'ayetaku mumu, n'amubuukya ebyo bwe bibbaire. 27N'amukoba nti Omugande wo aizire: no Itaawo amwitiire enyana ensavu kubanga amuzaawire nga mulamu:28Naye n'asunguwala, n'atataka kuyingira: itaaye n'afuluma n'amwegayirira. 29Naye iye n'aiamu n'akoba itaaye nti Bona, emyaka gino mingi nga nkuweereza, so tikusobyanga n'akatono ky'ondagiire; nzeena enaku gyonagyna tompanga na kabuli ko kusanyuka ne mikwanu gyange; 30naye omwana wo oyo, eyaliire eby'obulamu bwo wamu n'abenzi, bw'aizire, ng'omwitira enyana ensavu.31Iye n'amukoba nti Mwana wange, niiwe buliijo ng'oli wamu nanze, era byonabyona ebyange niibyo ebibyo. 32Naye okujaguza n'okusanyuka kwe nsonga: kubanga mugande wo oyo yabbaire afwire, azuukiire; era yabbaire azaawire, azaawukire. 33kale kiri kityo buli muntu yenayena ku imwe ateefirizienga byonabyona by'ali nabyo, tasobolenga kubba muyigirizwa wange.34kale omungu musa: naye n'omunyu bwe gujaaluka,muliiryamu ki? 35Tegusaanira nimiro waire olubungo, bagusuula wanza. Alina amatu ag'okuwulira, awulire.
1Awo abawooza bonabona n'ababbaire n'ebibbiibi babbaire nga bamusemberera okumuwulira. 2Abafalisaayo era n'abawandiiki ne beemulugunya, nga bakoba nti Ono asembezia abalina ebibbiibi, era alya nabo.3N'abagerera olugero luno, ng'akoba nti 4Muntu ki ku imwe alina entama ekikumi, bw'abulwaku eimu, ataleka gidi ekyenda mu mwenda ku itale, n'asengererya edi eyagotere, okutuusya lw'aligibona? 5Kale bw'aligibona, agiteeka ku ibega lye ng'asanyuka6Bw'atuuka eika, ayeta emikwanu gye na baliraanwa be, n'abakoba nti Munsanyukireku, kubanga nzwire entama yange eyabbaire egotere. 7Mbakoba nti kityo lyabbanga isanyu mu igulu olw'oyo alina ebibbiibi omumu eyeenenya, okusinga abatuukirivu ekyenda mu mwenda, abateetaaga kwenenya.8Oba mukali ki alina empiya ekumi, bw'agoteebwaku empiya imu, atakoleezia tabaaza n'ayera enyumba, n'anyiikira okusagira okutuusya lw'agizuula? 9Bw'agibona, ayeta mikwanu gye na baliraanwa be nakoba nti Munsanyukireku, kubanga nzwire empiya eyabbaire egotere. 10Mbakoba nti kityo libba isanyu mu maiso ga bamalayika ba Katonda olw'oyo alina ebibbiibi omumu eyeenenya.11N'akoba nti Waaliwo omuntu eyabbaire alina abataane babiri: 12omutomuto n'akoba itaaye nti Itawange, mpa omugabo gw'ebintu oguŋwaniire. Kale n'abagabira eby'obulamu bwe.13Awo oluvanyuma lw'enaku ti nyingi, oyo omwana omutomuto n'akuŋaanya ebibye byonabyona, n'atambula n'ayaba mu nsi ey'ewala; n'asaansaanyirya eyo ebintu bye mu mpisa embiibi. 14Awo bwe yamalire okubirya byonabyona, enjala nyingi n'egwa mu nsi omwo, n'atandika okudaaga.15N'ayaba ne yeegaita n'omwami ow'omu nsi eyo; oyo n'amusindika mu kyalo kye okuliisyanga embizi. 16Ne yeegombanga okwikuta ebikuta embizzi bye gualyanga: ne watabbaawo muntu amuwa.17Naye bwe yeiriremu, n'akoba nti Abaweereza bameka ab'empeera aba itawange abaikuta emmere ne balemwa, nzeena nfiira wano enjala! 18Naagoloka ne njaba eri itawange, ne mukoba nti itawange, nyonoonere eri eigulu no mu maiso go; 19tinkaali nsaana kwetebwa mwana wo; nfuula ng'omumu ku baweereza bo ab'empeera.20N'agolokoka n'aiza eri itaaye. Naye yabbaire ng'akaali ali wala, itaaye n'amulengera, n'amusaasira, n'airuka mbiro, n'amugwa mu kifubba, n'amunywegera inu. 21Oyo omwana n'amukoba nti Itawange, nyonoonere eri eigulu no mu maiso go; ti nkaali nsaana kwetebwa mwana wo.22Naye Itaaye n'akoba abaidu be nti Mwabe muleete mangu olugoye olusinga gyonagyona, mulumuvaalisye: mumuteeke empeta ku ngalo, n'engaito mu bigere bye: 23muleete n'enyana ensavu, mugiite, tulye, tusanyuke; 24kubanga omwana wange ono yabbaire afwire, azuukiire; yabbaire azawire, azaawukire. Ne batandika okusanyuka.25Naye omwana we omukulu yabbaire mu kyalo; bwe yaizire ng'ali kumpi okutuuka ku nyumba, n'awulira eŋoma n'amakina. 26Ku baidu n'ayetaku mumu, n'amubuukya ebyo bwe bibbaire. 27N'amukoba nti Omugande wo aizire: no Itaawo amwitiire enyana ensavu kubanga amuzaawire nga mulamu:28Naye n'asunguwala, n'atataka kuyingira: itaaye n'afuluma n'amwegayirira. 29Naye iye n'aiamu n'akoba itaaye nti Bona, emyaka gino mingi nga nkuweereza, so tikusobyanga n'akatono ky'ondagiire; nzeena enaku gyonagyna tompanga na kabuli ko kusanyuka ne mikwanu gyange; 30naye omwana wo oyo, eyaliire eby'obulamu bwo wamu n'abenzi, bw'aizire, ng'omwitira enyana ensavu.31Iye n'amukoba nti Mwana wange, niiwe buliijo ng'oli wamu nanze, era byonabyona ebyange niibyo ebibyo. 32Naye okujaguza n'okusanyuka kwe nsonga: kubanga mugande wo oyo yabbaire afwire, azuukiire; era yabbaire azaawire, azaawukire.
1Awo n'akoba abayigirizwa be boona nti Wabbairewo omuntu omugaiga eyabbaire no omuwanika we; oyo ne bamuloopa gy'ali ng'asaansaanya ebintu bye. 2N'amweta n'amukoba nti Kiki kino kye mpulira ku iwe? bona omuwendo ogw'obuwanika bwo; kubanga tosobola ate kubaa muwanika3Oyo omuwanika n'atumula mukati mu iye nti Naakola ntya, kubanga mukama wange antoolaku obuwanika bwange? Mbula galima; n'okusabirirya nkwatibwa ensoni. 4Maite kye naakola, bwe naagobebwa mu buwanika, bansembezie mu nyumba gyabwe.5N'ayeta buli alina eibbanja lya mukama we, n'akoba ow'oluberyeberye nti Mukama wange akubanja ki? 6N'akoba nti Ebigera by'amafuta kikumi. N'amukoba nti Twala ebbaluwa yo, otyame mangu owandiike ataanu. 7Ate n'akoba ogondi nti Weena obanjibwa ki? N'akoba nti Emitwalo gy'eŋaanu kikumi. N'amukoba nti Twala ebbaluwa yo, owandiike kinaana.8Awo mukama we n'atendereza oyo omuwanika omulyazaamaanya kubanga akolere bya magezi: kubanga abaana ab'ebiseera bino bagezigezi mu mirembe gyabwe okusinga abaana b'omusana. 9Nzeena mbakoba nti Mwekwanirenga emikwanu mu mamona atali mutuukirivu; bw'aliwaawo, babasembezie mu weema gidi ezitawaawo.10Abba omwesigwa ku kintu ekitono einu, no ku kinene abba mwesigwa: era abba omulyazaamaanya ku kintu ekitono einu, no ku kinene abba mulyazaamaanya. 11Kale bwe mutaabenga beesigwa ku mamona atali mutuukirivu, yani alibagisisya obugaiga obw'amazima? 12Era bwe mutaabbenga beesigwa ku ekyo ekya beene, ekyanyu yani alikibawa?13Wabula muweereza ayinza okuweereza abaami ababiri; kubanga oba alikyawaku omumu n'ataka ogondi; oba aligumira ku mumu n'anyooma ogondi. Tasobola kuweerezanga Katonda no mamona.14N'Abafalisaayo, ababbaire abataki b'efeeza, ne bawulira ebyo byonabyona; ne bamusekerera. 15N'abakoba nti Imwe muumwo abeefuula abatuukirivu mu maiso g'abantu; naye Katonda amaite emyoyo gyanyu; kubanga ekigulumizibwa mu bantu kyo muzizo mu maiso ga Katonda.16Amateeka na banabbi byabbairewo okutuuka ku Yokaana: okuva olwo enjiri y'obwakabaka bwa Katonda ebuulirwa, era buli muntu abuyingiramu lwa maani. 17Naye kyangu eigulu n'ensi okuwaawo, okusinga enyukuta eimu ey'amateeka okuwaawo.18Buli muntu yenayena eyabbinganga omukali we n'akwa ogondi, ng'ayendere; n'oyo eyakwanga eyabbingibwe abba ng'ayendere19Awo wabbairewo omuntu omugaiga eyavaalanga olugoye olw'efulungu ne bafuta ensa, ng'asanyukanga buliijo mu kwesiima: 20era wabbairewo n'omwavu eriina lye Laazaalo eyagalamizibwanga ku mulyango gwe, eyabbaire awumukirewumukire amabbwa, 21nga yeegomba okwikukuta ebyagwanga okuva ku meenza y'omugaiga; era embwa gyoona gyalyaga ne gimukombereranga amabbwa ge22Awo olwatuukire omwavu n'afa, n'asitulibwa bamalayika nateekebwa mu kifubba kya Ibulayimu. N'omugaiga n'afa, n'aziikibwa. 23N'ayimusirya amaiso ge mu Magombe ng'ali mu kulumizibwa, n'alengera Ibulayimu wala, no Laazaalo ng'ali mu kifubba kye.24N'atumulira waigulu n'akoba nti Itawange Ibulayimu, nsaasira, otume Laazaalo, ainike ensonda y'olugalo lwe mu maizi, ampolyewolye olulimi lwange; kubanga numwa mu musyo guno.25Naye Ibulayimu n'amugamba nti Mwana wange, ijukira nga waweebwanga ebisa byo mu bulamu bwo, era no Laazaalo atyo ebbiibi; naye atyanu iye asanyusibwa, iwe olumwa. 26Era ku ebyo byonabyona, wakati waisu naimwe waliwo olukonko oluwanvu olwateekeibwewo, abataka okuva eno okwiza gye muli balekenga okusobola, era balekenga okuva eyo okubitawo okwiza gye tuli.27N'akoba nti Kale, nkwegayiriire, itawange, omutume mu nyumba ya itawange; 28kubanga nina ab'oluganda bataanu; abategeezye baleke okwiza boona mu kifo kino ekirimu okulumwa.29Naye Ibulayimu n'akoba nti Balina Musa na banabbi; babawulirenga abo. 30N'akoba nti Bbe, itawange Ibulayimu; naye omumu ku bafu bw'alyaba gye bali balyenenya. 31N'amukoba nti Nga bwe batawuliire Musa ne banabbi, era waire omumu ku bafu bw'alizuukira, talibaikiririsya.
1N'akoba abayigirizwa be nti Tekisoboka ebyesitalya obutaiza; naye zimusanze oyo abireeta! 2Waakiri oyo okusibibwa olubengo mu ikoti lye, okusuulibwa mu nyanza, okusinga okwesitazya omumu ku abo abatobato.3Mwekuumenga: muganda wo bw'ayonoonanga, omubuuliriranga; bwe yeenenyanga, omusonyiwanga. 4Era bw'akwonoonanga emirundi omusanvu ku lunaku olumu, era emirundi omusanvu n'akukyukira ng'akoba nti Nenenyerye; omusonyiwanga.5Abatume ne bakoba Mukama waisu nti Otwongereku okwikirirya. 6Mukama waisu n'akoba nti Singa mulina okwikirirya okutono ng'akampeke ka kalidaali, mwandikobere omusikamiini guno nti Siguka osimbibwe mu nyanza; era gwandibawuliire.7Naye yani ku imwe, alina omwidu ng'alima oba ng'aliisya entama, bw'ayingira ng'ava mu lusuku, alimukoba nti Iza mangu ago otyame olye; 8naye atamukoba nti Iwula emere ndye, weesibe, ompeererye, male okulya n'okunywa; weena kaisi olye era onywe?9Amwebalya omwidu oyo olw'okukola by'alagiibwe? 10Era mweena mutyo, bwe mumalanga okukola byonabyona bye mwalagiirwe, mukobenga nti Ife tuli baidu abatasaana; ebyatugwaniire okukola bye tukolere.11Awo olwatuukire bwe babbaire mu ngira nga bagende e Yerusaalemi yabbaire ng'abita wakati we Samaliya ne Galiraaya. 12Awo bwe yayingira mu mbuga eimu ne bamusisinkana abantu ikumi abagenge, abaayemereire ewala; 13ne batumulira waigulu ne bakoba nti Yesu, Mukama waisu, otusaasire.14Bwe yababoine n'abakoba nti Mwabe mwerage eri bakabona. Awo olwatuukire bwe babbaire nga baaba ne balongoosebwa. 15Awo Omumu ku ibo, bwe yaboine ng'awonere, n'aira n'atendereza Katonda n'eidoboozi inene; 16n'avuunama awali ebigere bye, ng'amwebalya: era oyo yabbire Musamaliya.17Yesu n'airamu nakoba nti Eikumi bonabona tebalongooseibwe? naye badi omwenda bali luda waina? 18Tebabonekere abaira okutendereza Katonda, wabula omugeni ono? 19N'amugamba nti Yimuka, oyabe: okwikirirya kwo kukuwonyerye.20Bwe yabuuziibwe Abafalisaayo nti Obwakabaka bwa Katonda bwiza di? n'abairamu n'akoba nti Obwakabaka bwa Katonda tebwiza nga bweyolekere: 21so tebalikoba nti Bona, buli waano! Oba nti Buli waadi! Kubanga, bona, obwakabaka bwa Katonda buli mukati mu imwe!22N'akoba abayigirizwa be nti Enaku gyaba kwiza lwe mulyegomba okubonaa olumu ku naku gy'Omwana w'omuntu, so temulilubona. 23Kale balibakoba nti Bona, wadi! Bona, wano! temwabanga, so temusengereryanga; 24kubanga okumyansia bwe kumyansirye ku luuyi olumu olw'eigulu, nga bwe kumasamasirye no ku luuyi olundi olw'eigulu, atyo Omwana w'omuntu bw'alibba ku lunaku lwe.25Naye okusooka kimugwanira okubonyaabonyezebwa ebingi n'okugaanibwa ab'emirembe gino. 26Era nga bwe byabbaire mu nnaku gya Nuuwa, bityo bwe biribba no mu naku gy'Omwana, w'omuntu. 27Babbaire nga balya, nga banywa, nga bakwa, nga babayirya, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingiire mu lyato, amataba ne gaiza, ne gabazikirirya bonabona.28Era nga bwe byabbaire mu naku gya Luti; babbaire nga balya, nga banywa, nga bagula nga batunda, nga basiga, nga bazimba; 29naye ku lunaku ludi Luti lwe yaviire mu Sodoma, omusyo n'ekibiriiti ne bitonnya okuva mu igulu ne bibazikirirya bonabona:30bityo bwe biribba ku lunaku Omwana w'omuntu lw'alibikuliwa. 31Ku lunaku olwo, alibaa waigulu ku nyumba, n'ebintu bye nga biri mu nyumba, taikanga kubitoolamu; n'ali mu lusuku atyo tairanga nyuma.32Mwijukire muki wa Luti. 33Buli asagira okulokola obulamu bwe alibugotya; naye buli abugotya alibuwonya.34Mbakoba nti Mu bwire obwo babiri balibba ku kitanda kimu; omumu alitwalibwa, n'ogondi alirekebwa. 35Abakali babiri balibba nga basyeera wamu; omumu alitwalibwa, n'ogondi alirekebwa. 36Ababiri balibba mu lusuku; omumu alitwalibwa, n'ogondi alirekebwa.37Ne bairamu ne bamukoba nti Waina, Mukama waisu? N'abakoba nti Awabba omulambo eyo n'ensega we girikuŋaanira.
1N'abagerera olugero bwe kibagwanira okusabanga buliijo, obutakoowanga; 2n'akoba nti Waaliwo omulamuzi mu kibuga kimu, atatya Katonda, era nga tateekamu muntu kitiibwa;3era wabbairewo namwandu mu kibuga ekyo; n'aizanga w'ali ng'akoba nti Namula n'omulabe wange. 4N'atasooka kwikirirya; naye oluvanyuma n'atumula mukati mu iye nti waire nga ti ntya Katonda, era nga tintekamu muntu kitiibwa; 5naye olw'okunteganya namwandu ono kw'anteganya namulamula, aleke okuntengeiza ng'aiza kiseera.6Mukama waisu n'akoba nti Muwulire omulamuzi oyo atali mutuukirivu ky'akoba. 7Kale no Katonda taliramula balondebe abamukungirira emisana n'obwire, ng'akaali agumiinkiriza? 8Mbagamba nti Alibalamula mangu. Naye Omwana w'omuntu bw'aliiza, alibona okwikirirya ku nsi?9N'abandi ababbaire beerowooza ku bwabwe okubba abatuukirivu nga banyooma abandi bonabona, n'abakoba olugero luno, nti 10Abantu babiri baniinire mu yeekaalu okusaba, omumu Mufalisaayo, ogondi muwooza.11Omufalisaayo n'ayemerera n'asaba yenka ebigambo bino nti Ai Katonda, nkwebalya kubanga tindi nga bantu abandi bonabona, abanyagi, abalyazaamaanya, abenzi, waire ng'ono omuwooza. 12Nsiiba emirundi ibiri mu sabbiiti; mpaayo ekitundu eky'eikumi ku byonabyona bye nfuna.13Naye omuwooza n'ayemerera wala, n'atataka no kuyimusya maiso ge mu igulu, naye ne yeekubba mu kifuba ng'akoba nti Ai Katonda, onsaasire nze alina ebibbiibi. 14Mbakoba nti Oyo yanka okwirayo mu nyumba ye ng'aweereirwe obutuukirivu okusinga odi; kubanga buli eyeegulumizya alitoowazibwa; n'oyo eyeetoowazya aligulumizibwa.15Awo ne baleeta n'abaana abatobato w'ali, okubakwataku: naye abayigirizwa bwe baboine, ne bababogolera. 16Naye Yesu n'abeeta ng'akoba nti Muleke abaana abatobato baize gye ndi, temubagaana: kubanga abali ng'abo obwakabaka bwa Katonda niibwo bwabwe. 17Mazima mbakoba nti Buli ataikiriryenga bwakabaka bwa Katonda ng'omwana omutomuto, talibuyingiramu n'akatono.18N'omuntu omukulu omumu n'amubuulya ng'akoba nti Omwegeresya omusa, nkole ntya okusikira obulamu obutawaawo? 19Yesu n'amukoba nti Onjetera ki omusa? wabula musa okutoolaku omimu, niiye Katonda. 20Amateeka ogamaite nti Toyendanga, Toitanga, Toibbanga, Towaayirizanga, Oteekangamu ekitiibwa itaawo no mawo. 21N'akoba nti Ebyo byonabyona nabikwatanga okuva mu butobuto bwange.22Yesu bwe yawulire n'amukoba nti Okyaweebuukireku kimu; tunda by'oli nabyo byonabyona, obigabire abaavu, awo olibba n'obugaiga mu igulu: kaisi oize onsengererye. 23Naye bwe yawuliirwe ebyo n'anakuwala inu; kubanga yabbaire mugaiga inu.24Awo Yesu bwe yamuboine n'akba nti Nga kizibu abalina obugaiga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda! 25Kubanga kyangu eŋamira okubita mu nyindo y'empisyo, okusinga omugaiga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.26Abawuliire ne bakoba nti Kale yani ayinza okulokoka? 27Naye n'akoba nti Ebitasoboka eri abantu bisoboka eri Katonda.28Peetero n'akoba nti Bona, ife twalekere ebyaisu ne tukusengererya. 29N'abakoba nti Mazima mbakoa nti Wabula muntu eyalekere enyumba, oba mukali, oba bo luganda, oba bazaire, oba baana, olw'obwakabaka bwa Katonda, 30ataweebwa ate emirundi mingi mu biseera bino, no mu biseera ebyaba okwiza obulamu obutawaawo.31N'atwala abo eikumi n'ababiri n'abakoba nti Bona, tuniina e Yerusaalemi, n'ebyo byonabyona ebyawandiikiibwe banabbi birituukirira ku Mwana w'omuntu. 32Kubanga aliweebwayo mu b'amawanga, aliduulirwa, alikolebwa ekyeju, alifujirwa amanta: 33balimukubba enkoba, balimwita; era ku lunaku olw'okusatu alizuukira.34Boona ne batategeerawo ku ebyo n'ekimu; n'ekigambo ekyo kyabbaire kibagisiiwe, ne batategeera ebyatumwirwe.35Awo olwatuukire bwe yabbaire ng'alikumpi okutuuka e Yeriko, omuzibe w'amaiso yabbaire ng'atyaime ku ngira ng'asabirirya; 36awo bwe yawuliire ekibiina nga kibita, n'abuulya nti kiki ekyo: 37Ne bamukobera nti Yesu Omunazaaleesi abita.38N'atumulira waigulu ng'akoba nti Yesu, omwana wa Dawudi, onsassire. 39N'abo ababbaire batangiire ne bamubogolera okusirika; naye iye ne yeeyongera inu okutumulira waigulu nti iwe omwana wa Dawudi, onsaasire.40Yesu n'ayemerera, n'alagira okumuleeta w'ali; awo bwe yasembeire okumpi, n'amubuulya nti 41Otaka nkukolere ki? N'akoba nti Mukama wange, ntaka okuzibula.42Yesu n'amukoba nti Zibula: okukkirirya kwo kukulokoire. 43Amangu ago n'azibula, n'amusengererya ng'agulumizia Katonda: n'abantu bonabona bwe baboine ne batenderezya Katonda.
1Nayingira mu Yeriko n'abba ng'agibitamu. 2Kale, , wabbairewo omuntu eyabbaire ayetebwa eriina lye Zaakayo, naye yabbaire mukulu w'ebawooza, era nga mugaiga.3N'asala amagezi okubona Yesu bw'ali; n'atasobola olw'ekibiina, kubanga ekigera kye yabbaire mumpi. 4N'airuka n'akumutangira, n'aniina ku musaale omusikamooli amubone: kubanga yabbaire agenda kubita mu ngira eyo.5Awo Yesu bwe yatuukire mu kifo w'ali, n'alinga waigulu, n'amukoba nti Zaakayo, ika mangu; kubanga atyanu kiŋwaaniire okutyama mu nyumba yo. 6N'aika mangu, n'amusangaliira ng'asanyuka. 7Bwe baboine, ne bamwemulugunyirya bonabona, nga bakoba nti Ayingiire okugona omw'omuntu alina ebibbiibi.8Zaakayo n'ayemerera n'akoba Mukama waisu nti Bona, Mukama wange, ekitundu ky'ebintu byange mbawa abaavu; oba nga nalyazaamaanyire omuntu yenayena ekintu kye, muliyirira emirundi ina. 9Yesu n'amukoba nti Atyanu okulokolebwa kwizire mu nyumba muno, kubanga yeena mwana wa Ibulayimu. 10Kubanga Omwana w'omuntu yaizire okusagira n'okulokola ekyo ekyagotere.11Awo bwe bawuliire ebyo ne yeeyongera n'agera olugero, kubanga yabbaire kumpi ne Yerusaalemi, era kubanga babbaire balowooza ng'obwakabaka bwa Katonda bwaba kuboneka mangu ago. 12Kyeyaviire akoba nti Waaliwo omuntu omukulu eyayabire mu nsi y'ewala, okulya obwakabaka kaisi aire.13N'ayeta abaidu be ikumi, n'abawa esente bibiri, n'abakoba nti Musuubuzenga okutuusya we ndizira. 14Naye basaiza be ne bamukyawa, ne batuma ababaka enyuma we, nga bakoba nti Tetutaka oyo kutufuga. 15Awo olwatuukire bwe yairire ng'amalire okulya obwakabaka, n'alagira okweta abaidu abo be yawaire efeeza, kaisi amanye amagoba ge baasuubwire.16Ow'oluberyeberye n'aiza n'akoba nti Mukama wange, esente gyo abiri gaviiremu amagoba g'esente bibiri. 17N'amukoba nti Weebale, omwidu omumu kubanga wabbaire mwesigwa ku kintu ekitono einu, kale bba n'obuyinza ku bibuga ikumi.18N'aiza ow'okubiri ng'agamba nti Mukama wange, esente gyo abiri gyaviiremu amagoba esente kikumi. 19N'oyo n'amukoba nti Weena bba ku bibuga bitaanu.20N'ogondi n'aiza n'akoba nti Mukama wange, bona, esente gyo gino abiri najigisanga gisibiibwe mu kiwero: 21kubanga nakutiire kubanga oli muntu mukakanyali: olonda ky'otaateekerewo, okungula ky'otaasigiire.22N'amukoba nti omunwa gwo gwakunsaliire omusango, iwe omuntu omubbiibi. Wabbaire omaite nga nze ndi muntu mukakanyali, nga nonda kye ntateekerewo, nga nkungula kye ntasigire; 23kale kiki ekyakulobeire okuwa esente jange abasuubuzi nange bwe nandizire nandigitwire n'amagoba gagyo?24N'akoba ababbaire bemereire awo nti Mumutooleku esente gye, mugiwe oyo alina esente ebibiri 25Ne bamukoba nti Mukama waisu, alina ensente ebibiri.26Mbakoba nti Buli alina aliweebwa; naye oyo abula, era ekyo ky'ali nakyo , kirimutoolebwaku. 27Naye abo abalabe bange abatataka nze kubafuga, mubaleete wano mubaitire mu maiso gange.28Awo bwe yamalire okutumula ebyo n'atangira n'aniina e Yerusaalemi.29Awo olwatuukire bwe yabbaire ng'ali kumpi okutuuka e Besufaage n'e Besaniya, ku lusozi olwetebwa olwa Zeyituuni, n'atuma ku bayigirizwa be babiri, 30ng'akoba nti Mwabe mu mbuga eri mu maiso ganyu; bwe mwayingira omwo mwabona omwana gw'endogoyi nga gusibiibwe oguteebagalwangaku muntu: mugusuwundule muguleete 31Era omuntu bw'ababuulya nti Mugusuwundulira ki? mukobe mutyo nti Mukama waisu niiye agwetaaga.32Boona abaatumiibwe ne baaba, ne babona nga bw'abakobere. 33Awo bwe babbaire nga basuwundula omwana gw'endogoyi abbene baagwo ne babagamba nti Musuwundulira ki omwana gw'endogoyi ogwo? 34Ne bakoba nti Mukama waisu niiye agwetaaga. 35Ne baguleeta eri Yesu: ne baaliirira engoye gyabwe ku mwana gw'endogoyi, ne beebagalyaku Yesu. 36Awo yabbaire ng'ayaba ne baaliirira engoye gyabwe mu luguudo.37Awo bwe yabbaire ng'ali kumpi okutuuka mu kiiko ky'olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonakyona eky'abayigirizwa ne batandika okusanyuka n'okutendereza Katonda n'eidoboozi einene olw'eby'amagero byonabyona bye baboine; 38nga bakoba nti Aweweibwe omukisa Kabaka aiziira mu liina lya Mukama: emirembe mu igulu, n'ekitiibwa waigulu einu.39Abafalisaayo abamu ab'omu kibiina ne bamukoba nti Omuyigiriza, sirikya abayigirizwa bo. 40N'airamu n'abakoba nti Mbakoba nti Abo bwe basirika, amabbaale gatumulira waigulu.41Awo bwe yasembeire okumpi, n'abona ekibuga n'akikungirira, 42ng'akoba nti Singa omaite ku lunaku luno, iwe, ebigambo eby'emirembe! naye atyanu bigisiibwe amaiso go.43Kubanga enaku girikwizira, abalabe bo lwe balikuzimbaku ekigo, balikwetooloola, balikuzingizya enjuyi gyonana, 44balikusuula wansi, n'abaana bo abali mukati mwo; so tebalikulekamu ibbaale eriri kungulu ku ibbaale; kubanga tewamanyire biseera byo kukyalirwa kwo.45N'ayingira mu yeekaalu, n'asooka okubbingamu abbaire batunda 46ng'abakoba nti Kyawandiikiibwe nti Era enyumba yange yabbanga nyumba yo kusabirangamu: naye imwe mugifwire mpuku ya banyagi47Awo n'ayegeresyanga mu yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n'abawandiiki n'abakulu b'abantu ne basala amagezi okumuzikirizya: 48ne batabona kye banaakola; kubanga abantu bonabona baamuteekereku inu omwoyo nga bamuwulira.
1Awo olwatuukire ku lunaku olumu ku egyo, yabbaire ng'ayegeresya abantu mu yeekaalu, ng'abuulira enjiri, bakabona abakulu n'abawandiiki awamu n'abakaire ne bamwizira; 2ne batumula nga bamukoba nti Tukobere; buyinza ki obukukozesya bino? Oba yani eyakuwaire obuyinza obwo?3N'airamu n'abakoba nti Nzeena ke mbabuulye ekigambo kimu; munkobere: 4okubatiza kwa Yokaana kwaviire mu igulu aba mu bantu?5Ne bateeserye bonka na bonka, nga bakoba nti Bwe twakoba Kwaviire mu igulu; yakoba nti Kiki ekyabalobeire okumwikirirya? 6Naye bwe twakoba ati kwaviire mu bantu; abantu bonabona batukubba amabbaale: kubanga baikirirya dala Yokaana okubba nabbi.7Ne bairamu nti tebamaite gye kwaviire. 8Yesu n'abagamba nti Kale nzeena timbakobere imwe buyinza obunkozesya bino gye bwaviire.9N'asooka okubuulira abantu olugero luno nti Omuntu omumu yasimbire olusuku lw'emizabbibu, n'alusigira abalimi, n'ayaba mu nsi egendi n'alwayo. 10Awo mu biseera by'omwaka abalimi n'abatumira omwidu, bamuwe ku bibala by'omu lusuku lw'emizabbibu: naye abalimi ne bamukubba, ne bamusindika nga abula kintu.11N'ayongera okutuma omwidu ogondi; n'oyo ne bamukubba, ne bamuswaza ne bamusindika nga abula kintu. 12N'ayongera okutuma ow'okusatu: n'oyo yeena ne bamufumita ne bamubbinga.13Oyo mukama w'olusuku lw'emizabbibu n'akoba nti Naakola ntya? Ka ntume omwana wange omutakibwa: koizi oyo balimuteekamu ekitiibwa. 14Naye abalimi bwe baamuboine, ne bateesya bonka na bonka, nga bakoba nti Ono niiye omusika: tumwite, obusika bubbe bwaisu15Ne bamubbinga mu lusuku lw'emizabbibu, ne bamwita. Kale alibakola atya mukama w'olusuku lw'emizabbibu? 16Aliiza n'azikirirya abalimi abo, n'olusuku lw'emizabbibu aliruwa abandi. Bwe baawulira ebyo, ne bakoba nti Bireke okubbaawo.17Naye iye n'abalingirira n'akoba nti Kale kiki kino ekyawandiikiibwe nti Eibbaale abazimbi lye baagaine, Eryo niilyo elyafuukire omutwe ogw'oku nsonda? 18Buli agwa ku ibbaale eryo alimenyekamenyeka; naye oyo gwe lirigwaku, lirimufuumuula ng'enfuufu.19Awo abawandiiki na bakabona abakulu ne basala amagezi okumuteekaku emikono mu kiseera ekyo; ne batya abantu; kubanga baategeire nti ku ibo kw'agereire olugero olwo. 20Ne bamulabirira, ne batuma abakeeti nga beefuula abatuukirivu, balandukire ku bigambo bye, kaisi bamuweeyo eri okufuga okw'oweisaza n'eri obuyinza bwe.21Ne bamubuulya, nga bakoba nti Omwegeresya, tumaite ng'otumula era ng'oyegeresya eby'amazima, so tososola mu bantu, naye oyegeresya mazima engira ya Katonda: 22kirungi ife okuwanga Kayisaali omusolo, oba ti niwo awo?23Naye n'ategeera obukuusa bwabwe, n'abakoba nti Mundage edinaali. 24Ekifaananyi ekiriku n'obuwandiikeku by'ani? Ibo ne bakoba nti Bya Kayisaali.25N'abakoba nti Kale ebya Kayisaali mumusasulenga Kayisaali, n'ebya Katonda mumusasulenga Katonda. 26Ne batasobola kutoola nsonga mu kigambo ekyo mu maiso g'abantu, ne beewuunya ky'airiremu, ne basirika.27Abasaddukaayo abamu ne baiza gy'ali, abakoba nti wabula kuzuukira; ne bamubuulya, 28nga bagamba nti Omwegeresya, Musa yatuwandiikiire nti Omugande w'omuntu bw'afanga ng'alina omukali, nga bula mwana, mugande we akwe omukali oyo airiryeewo omugande eizaire.29Kale wabbairewo ab'oluganda musanvu: ow'oluberyeberye n'akwa omukali, n'afa nga bula mwana; 30n'ow'okubiri; 31n'ow'okusatu n'amukwa; era batyo badi omusanvu ne bafa, ne batalekaawo baana. 32Oluvanyuma n'omukali n'afa. 33Kale mu kuzuukira alibba mukali wani ku abo? kubanga bonabona omusanvu baamukweire.34Yesu n'abakoba nti Abaana b'ensi eno bakwa, bafumbizibwa: 35naye badi abasaanira okutuuka mu nsi eyo no mu kuzuukira okw'omu bafu, tebakwa, so tebafumbizibwa: 36kubanga n'okufa tebasobolao kufa ate: kubanga bali nga bamalayika; era niibo baana ba Katonda, nga bwe bali abaana b'okuzuukira.37Okumanya ng'abafu bazuukira, no Musa yakiragire ku Kisaka bwe yamwetere Mukama Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. 38Naye iye ti Katonda wa bafu, naye wa balamu: kubanga bonabona babba balamu ku bubwe.39Abawandiiki abamu ne bairamu, nga bakoba nti Omwegeresya, otumwire kusa. 40Kubanga tebasoboire kumubuulya kigambo kyonakyona ate.41N'abakoba nti Batumula batya nga Kristo niiye mwana wa Dawudi? 42Kubanga Dawudi mweene atumula mu kitabo kya Zabbuli nti Mukama yakobere Mukama wange nti Tyama ku mukono gwange omuliiro, 43Okutuusia lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo. 44Dawudi amweta Mukama we, kale mwana we atya?45Awo abantu bonabona bwe babbaire nga bamuwulira, n'akoba abayigirizwa be nti 46Mwekuumenga Abawandiiki; abataka okutambuliranga mu ngoye empanvu, abataka okusugiribwanga mu butale, n'entebe egyomu maiso mu makuŋaaniro, n'ebifo eby'ekitiibwa ku mbaga; 47abanyaga enyumba gya banamwandu, abasaba einu mu bunanfuusi: abo balisalirwa omusango ogusinga obunene.
1Awo n'ayimusia amaaio, n'abona abagaiga ababbaire basuula ebirabo byabwe mu igwanika. 2N'abona namwandu omumu omwavu ng'asuula omwo ebitundu by'eipeesa bibiri. 3N'akoba nti Mazima mbakoba nti Namwandu ono omwavu aswiremu bingi okusinga bonabona: 4kubanga abo bonnabona baswiremu ku bibafikire mu birabo: naye oyo mu kwetaaga kwe aswiremu byonana by'ali nabyo, niibwo bulamu bwe bwonabona.5Era abamu bwe babbaire batumula ku yeekaalu, bwe yayonjebwa n'amabbaale amasa n'ebiweebwayo, n'akoba nti 6Bino bye mubona, enaku egyaaba kwiza, lwe watalirekebwa ibbaale eriri ku ibbaale wano eritalisuulibwa.7Ne bamubuulya nga bakoba nti Omwegeresya, kale ebyo biribbaawo di? Kabonero ki akalibbaawo ebyo bwe biribba nga byaba okubbaawo? 8N'akoba nti Mumoge muleke okukyamizibwa; kubanga bangi abaliiza n'eriina lyange, nga batumula nti Niinze ono; era nti Obwire buli kumpi okutuuka: temubasengereryanga. 9Era bwe muwuliranga entalo n'ebikankanu, temwekanga: kubanga ebyo kibigwanira okusooka okwiiza; naye enkomerero terituuka mangu ago.10Kaisi n'abakoba nti Eigwanga lirirumba eigwanga, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka; 11walibbaawo n'ebikankano ebinene, no mu bifo ebindi enjala no kawumpuli; walibbaawo n'ebitiisia n'obubonero obunene obuva mu igulu.12Naye ebyo byonabyona nga bikaali kubbaawo, balibateekaku emikono, balibayiganya, nga babawaayo mu makuŋaaniro no mu makomera nga babatwala eri bakabaka n'abaamasaza olw'eriina lyange. 13Kiriba mujulizi gye muli.14Kale mukiteeke mu myoyo gyanyu, obutasookanga kulowooza bye muliiramu: 15kubanga nze ndibawa omunwa n'amagezi, abalabe banyu bonabona bye batalisobola kuwakana nabyo waire okubigaana.16Naye muliweebwayo abazaire banyu, n'ab'oluganda, n'ab'ekika, n'ab'emikwanu; n'abamu ku imwe balibateeka. 17Mweena mulikyayibwa bonabona olw'eriina lyange. 18N'oluziiri olw'oku mitwe gyanyu teruligota n'akatono. 19Mu kugumiinkiriza kwanyu mulifuna obulamu bwanyu.20Naye bwe mulibona Yerusaalemi nga kyetooloirwe eigye, kaisi ne mutegeera nti okuzikirira kwakyo kuli kumpi okutuuka. 21Mu biseera ebyo ababbanga mu Buyudaaya bairukiranga ku nsozi; n'ababbanga wakati mu ikyo bakifulumangamu; n'ababanga mu byalo tebakiyingirangamu. 22Kubanga egyo niigyo enaku egy'okuwalana eigwanga, ebyawandiikiibwe byonabyona kaisi bituukirire.23Giribasanga abalibba n'ebida n'abayonkya mu naku egyo! kubanga walibba okulaba enaku enyingi ku nsi n'obusungu eri abantu abo. 24Baliitibwa n'obwogi bw'ekitala, balinyagibwa okutwalibwa mu mawanga gonagona; ne Yerusaalemi kiriniinirirwa ab'amawanga okutuusia ebiseera by'ab'amawanga lwe birituukirira.25Era walibbaawo n'obubonero ku isana no ku mwezi no ku munyeenye; no ku nsi amawanga galinakuwala, nga basamaalirira olw'okuwuuma kw'enyanza n'amayengo; 26abantu nga bazirika olw'entiisia n'olw'okulingirira ebyo ebiiza ku nsi: kubanga amaani ag'omu igulu galinkankanyizibwa.27Kaisi ne babona Omwana w'omuntu ng'aizira mu kireri n'amaani n'ekitiibwa kinene. 28Naye ebigambo ebyo bwe bitandikanga okubbaawo mumoganga waigulu, muyimusianga emitwe gyanyu: kubanga okununulibwa kwanyu kuli kumpi okutuuka.29N'abakoba olugero; nti Mubone omutiini n'emisaale gyonagyona; 30kale bwe gitojera, mubona ne mutegeera mwenka, nti atyanu okukungula kuli kumpi. 31Era mweena mutyo, bwe mubonanga ebyo nga bibbaawo mumanyanga, nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi:32Mazima mbakoba nti Emirembe gino tegiriwaawo n'akatono okutuusia ebyo byonabyona lwe biribbaawo. 33Eigulu n'ensi biriwaawo; naye ebigambo byange tebiriwaawo n'akatono.34Naye mwekuumenga emyoyo gyanyu gireke okuzitoowererwanga olw'obuluvu n'okutamiiranga n'okweraliikiriranga eby'obulamu buno, era olunaku ludi luleke okubatuukaku ng'ekyambika; 35kubanga lutyo bwe lulituuka ku bonabona abali ku nsi yonayona.36Naye mumogenga mu biseera byonabyona musabenga musobole okwiruka ebyo byonabyona ebyaba okubbaawo n'okwemerera mu maiso g'Omwana w'omuntu.37Awo buli lunaku yabegeresyanga mu yeekaalu; bwe bwazibanga n'afuluma n'agona ku lusozi olwetebwa olwa Zeyituuni. 38Abantu bonabona ne bakeeranga amakeeri okwaba gy'ali mu yeekaalu okumuwulira.
1Awo embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa eyetebwa Okubitaku yabbaire erikumpi okutuuka. 2Bakabona abakulu n'abawandiiki ne basala amagezi bwe bwebamwita; kubanga babbaire batya abantu.3Awo Setaani n'ayingira mu Yuda ayetebwa Isikalyoti eyabbaire ku muwendo gw'abo eikumi n'ababiri. 4N'ayaba, n'ateesia na bakabona abakulu n'abaami ba sirikale bw'eyamuwaayo gye bali.5Ne basanyuka ne balagaana okumuwa efeeza. 6N'aikirirya n'asagira eibbanga mweyamuweerayo gye bali awabula kibiina.7Awo olunaku olw'emigaati egitazimbulukuswa ne lutuuka, olugwaniire okusalirwaku Okubitako. 8N'atuma Peetero no Yokaana ng'akoba nti Mwabe mututegekere Okubitaku tugirye. 9Ne bamukoba nti Otaka tugitegekere waina?10N'abakoba nti Bona, bwe wabba muyingiire mu kibuga mwasisinkana omuntu eyasisinkana naimwe eyeetiikire ensuwa y'amaizi; mumusengererye mu nyumba mweyayingira. 11Mwakoba omwene we nyumba nti Omuyigiriza akukobere nti Enyumba y'abageni eriwaina, mwe naaliira Okubitaku awamu n'abayigirizwa bange?12Era oyo yabalaga enyumba enene eya waigulu etimbiibwe: mutegekere omwo. 13Ne baaba, ne babona nga bw'abakobere: ne bategeka Okubitaku.14Awo ekiseera bwe kyatuukire, n'atyama ku mere, n'abatume awamu naye. 15N'abagamba nti Negombere inu okuliira awamu naimwe Okubitako kuno nga nkaali kubonyaabonyezebwa: 16kubanga mbakoba nti Tindirikulya n'akatono, okutuusia lwe kulituukirira mu bwakabaka bwa Katonda.17N'akwata ekikompe, ne yeebalya n'akoba nti Mutoole kino mugabane mwenka na mwenka: 18kubanga mbakoba nti Tindinywa okusooka atyanu bibala ku muzabbibu, okutuusia obwakabaka bwa Katonda lwe buliiza.19N'akwata omugaati ne yeebalya, n'agumenyamu, n'abawa ng'akoba nti Guno gwo omubiri gwange oguweebwayo ku lwanyu: mukolenga mutyo okunjijukiranga nze. 20Era n'ekikompe atyo bwe baamalire okulya; ng'akoba nti Ekikompe kino niiyo endagaano enjaaka mu musaayi gwange, oguyiika ku lwanyu.21Naye, bona, omukono gw'oyo andyamu olukwe guli wamu nanze ku meenza. 22Kubanga Omwana w'omuntu okwaba ayaba, nga bwe kyalagiirwe: naye gimusangire omuntu oyo amulyamu olukwe! 23Ne batandikiika okwebuulyaganya bonka na bonka nti anaaba yani ku ibo ayaba okukola ekyo.24Ne wabbaawo n'empaka mu ibo, nti yani ku ibo alowoozebwa okubba omukulu. 25N'abakoba nti Bakabaka b'ab'amawanga babafuga; n'abo abalina obuyinza ku ibo bayetebwa abakola obusa.26Naye imwe ti mutyo; naye omukulu mu imwe abbe ng'omutomuto; n'oyo akulembera, abbe ng'aweereza. 27Kubanga omukulu yani, atyama ku mere, oba aweereza? ti niiye oyo atyama ku mere? Naye nze wakati mu imwe ninga aweereza.28Naye imwe muli muuno abaagumiikirizanga awamu nanze mu kukemebwa kwanze; 29nzeena mbaterekera obwakabaka, nga Itawange bwe yangisiire nze, 30kaisi mulye era munywire ku meenza yange mu bwakabaka bwange; era mulityama ku ntebe egy'ekitiibwa, nga musalira emisango ebika eikumi n'ebibiri eby'Abaisiraeri.31Simooni, Simooni, bona, Setaani yeegayiriire okukonja imwe ng'eŋaanu: 32naye nze nkusabiire, okwikirirya kwo kuleke okwikirirya: weena bw'omalanga okukyuka, onywezianga bagande bo.33N'amukoba nti Mukama wange, neeteekereteekere okwaba naiwe no mu ikomera no mu kufa. 34N'akoba nti Nkukobera iwe, Peetero, enkoko atyanu teyaba kukokolyoka, nga okaali kuneegaana emirundi isatu nti tomaite.35N'abakoba nti Bwe nabatumire nga mubula nsawo, waire olukoba, waire engaito, mwabbaireku kye mwetaagire? Ne bakoba nti Bbe. 36N'abakoba nti Naye atyanu, alina ensawo, agitwale, n'ow'olukoba atyo: naye abula ekitala atunde olugoye lwe akigule.37Kubanga mbakoba nti kino ekyawandiikiibwe kigwaniire okutuukirizibwa ku nze nti Yabaliirwe wamu n'abasobya: kubanga ekiŋwaniire kirina okutuukirira. 38Ne bakoba nti Mukama waisu, bona, ebitala bibiri biinu. N'abakoba nti Binaamala.39N'afuluma n'ayaba ku lusozi olwa Zeyituuni, ng'empisa ye bwe yabbaire; n'abayigirizwa be boona ne bamusengererya. 40Awo bwe yatuukire mu kifo awo, n'abakoba nti Musabe muleke okuyingira mu kukemebwa.41Iye n'abaawukanaku ebbanga ng'awakasukibwa eibbaale; n'afukamira n'asaba, 42ng'akoba nti Itawange, bw'otaka, ntoolaku ekikompe kino: naye ti nga nze bwe ntaka, naye kyotoka iwe kikolebwe.43Malayika n'amubonekera ng'ava mu igulu ng'amuteekamu amaani. 44N'afuba ng'alumwa ne yeeyongera okusaba inu: entuuyo gye ne gibba ng'amatondo g'omusaayi, nga gatonya wansi.45Bwe yagolokokere mu kusaba, n'aiza eri abayigirizwa be, n'abasanga nga bagonere olw'enaku, 46n'abakoba nti Ekibagonerye ki? mugolokoke musabe, muleke okuyingira mu kukemebwa.47Yabbaire akaali agonere, bona, ekibiina n'oyo ayetebwa Yuda; omumu ku abo eikumi n'ababiri, ng'abatangiire; n’asemberera Yesu okumunywegera. 48Naye Yesu n'amukoba nti Yuda, Omwana w'omuntu omulyamu olukwe ng'omunywegera?49N'abo be yabbaire nabo bwe baboine ekyaba okubbaawo, ne bakoba nti Mukama waisu, tuteme n'ebitala? 50N'omumu ku abo n'atema omwidu wa kabona asinga obukulu n'amusalaku okitu kwe oky'omuliiro. 51Naye Yesu n'airamu n'akoba nti Koma ku ekyo kyonka. N'akwata ku kitu kye n'amuwonya.52Yesu n'akoba bakabona abakulu, n'abaami b'omu yeekaalu, n'abakaire, abaamwiziriire nti Mungiziriire ng'omunyagi, n'ebitala n'emiigo? 53Bwe nabbaanga naimwe buliijo mu yeekaalu, temwangololerangaku mikono gyanyu: naye kino niikyo ekiseera kyanyu, n'obuyinza bw'endikirirya.54Ne bamukwata, ne bamutwala, ne bamuyingirya mu nyumba ya kabona asinga obukulu. Naye Peetero n'asengererya ng'ava wala. 55Awo bwe babbaire nga bamalire okukuma omusyo wakati mu luya, nga batyaime wamu, Peetero n'atyama wakati mu ibo.56Awo omuwala omumu bwe yamuboine ng'atyaime awandi, n'amwekalirizia, n'akoba nti N'ono yabaire naye. 57Ne yeegaana ng'akoba nti Omukali, timumaaite. 58Ekiseera bwe kyabitirewo, ogondi n'amubona n'agkoba nti Weena oli ku ibo. Naye Peetero n'akoba nti Omuntu, ti ninze.59Wabbaire wabitirewo ekiseera ng'esaawa imu, ogondi n'akalirizia ng'akoba nti Mazima n'ono yabbaire wamu naye; kubanga Mugaliraaya. 60Naye Peetero n'akoba nti Omuntu, timumaite ky'otumula. Awo amangu ago, bwe yabbaire ng'akaali atumula, enkoko n'ekolyoka.61Awo Mukama waisu n'akyuka, n'alingirira Peetero. Peetero n'aijukira ekigambo kya Mukama waisu, bwe yamukobere nti atyanu enkoko yaabba ekaali kukolyoka, wabba onegaine emirundi isatu. 62N'afuluma ewanza, n'akunga inu amaliga.63N'abantu ababbaire bakwaite Yesu ne bamuduulira nga bamukubba. 64Ne bamubiika mu maiso, ne bamubuulya, nga bakoba nti Lagula: yani akukubbire? 65N'ebindi bingi ne babimutumulaku nga bamuvuma.66Awo obwire bwe bwakyeire, abakaire b'abantu ne bakuŋaana, bakabona abakulu era n'abawandiiki; ne bamutwala mu lukiiko lwabwe, nga bakoba nti 67Oba nga niiwe Kristo, tukobere. Naye n'abakoba nti Ne bwe nabakobera, temwikirirye n'akatono; 68ne bwe naababuulya, temwairemu n'akatono.69Naye okusooka atyanu Omwana w'omuntu ayaba kutyama ku mukono omuliiro ogw'amaani ga Katonda. 70Bonabona ne bakoba nti Kale iwe oli Mwana wa Katonda? N'abakoba nti Nga bwe mutumwire niinze ono. 71Ne bakoba nti Twetaagira ki ate abajulizi? Kubanga ife twewuliririire okuva mu munwa gwe iye.
1Ekibiina kyonakyona ne kigolokoka, ne kimutwala ewa Piraato. 2Ne basooka okumuloopa nga bakoba nti Ono twamuboine ng'akyamya eigwanga lyaisu, ng'abagaana okuwa Kayisaali omusolo, ng'atumula mweene okubba Kristo, kabaka.3Piraato n'amubuulya, ng'akoba nti Niiwe Kabaka w'Abayudaaya? N'amwiramu n'akoba nti Otumwire. 4Piraato n'akoba bakabona abakulu n'ebibiina nti Timbona nsonga yonayona ku muntu ono. 5Naye ibo ne beeyongera okutayirira nga bakoba nti Asasamalya abantu, ng'ayegeresya mu Buyudaaya bwonabwona, yasookeire Galiraaya okutuuka na wano.6Naye Piraato bwe yawuliire, n'abuulya oba ng'omuntu oyo Mugaliraaya. 7Bwe yategeire nga wo mu matwale ga Kerode, n'amuweereza ewa Kerode, kubanga yeena yabbaire mu Yerusaalemi mu naku egyo.8Awo Kerode bwe yaboine Yesu, n'asanyuka inu; kubanga okuva eira yatakanga okumubona kubanga yawuliire ebigambo bye; n'asuubira okubona ng'akola akabonero. 9N'amubuulirirya ebigambo bingi, naye iye n'atamwiramu kigambo. 10Bakabona abakulu n'abawandiiki ne bayemerera ne banywezia inu okumuloopa.11Awo Kerode na basirikale ne bamunyooma, ne bamuduulira, ne bamuvaalisya ekivaalo ekinekaaneka ne bamwiryayo ewa Piraato. 12Kerode no Piraato kaisi ne batabagana ku lunaku olwo; kubanga oluberyeberye babbaire bakyawagaine.13Piraato n'ayeta bakabona abakulu n'abakungu n'abantu, 14n'abakoba nti Mundeeteire omuntu ono, nti yakyamirye abantu; era, bona, nze bwe mukemerererya mu maiso ganyu, timboine nsonga ku muntu ono mu ebyo bye mumuloopere;15era, waire Kerode, kubanga amwirirye gye tuli; era, bona, wabula kigambo ky'akolere ekisaaniire okumwitisya: 16kale bwe naamalire okumubonereza, n'amulekula. 17Era kyamugwaniranga okubalekuliranga omusibe mumu ku mbaga18Naye ne bakaayana bonabona wamu, nga bakoba nti Twala ono, otulekuliere Balaba: 19niiye muntu gwe bateekere mu ikomera olw'obujeemu obwabbaire mu kibuga, n'olw'obwiti.20Piraato n'atumula nabo ate, ng'ataka okwita Yesu; 21naye ibo ne batumulira waigulu nga bakoba nti Mukomerere, mukomerere. 22N'abakoba omulundi ogw'okusatu nti Lwaki, ono akolere kibbiibi ki? Timboine ku iye nsonga emwitisya: kale bwe namala okumubonereza, n'amulekula.23Naye ibo ne bamuzitoowerera n'amaloboozi amanene, nga beegayirira okumukomerera. Amaloboozi gaabwe ne gasinga okukola. 24Piraato n'asalawo ebigambo bye beegayiriire. 25N'alekula oyo eyasuuliibwe mu ikomera olw'obujeemu n'obwiti gwe bamwegayiriire; naye n'awaayo Yesu okumukola nga bwe batakire.26Awo babbaire nga bamutwala, ne bakwata Omukuleeni Simooni, eyabbaire ava mu kyalo, ne bamutiika omusalaba, okugwetiika ng'ava enyuma Yesu.27Ekibiina kinene ne kimusengererya eky'abantu n'eky'abakali abaamukungirira, ne bamukungira. 28Naye Yesu n'abakyukira n'akoba nti Abawala ab'e Yerusaalemi, temukungira nze, naye mwekungire mwenka, n'abaana banyu.29Kubanga, bona, enaku giiza, mwe balikobera nti Balina omukisa abagumba, n'ebida ebitazaire n'amabeere agatayonkyerye. 30Kaisi ne batandikiika okukoba ensozi nti Mutugweku; n'obusozi nti Mutuvuunikire. 31Kubanga bwe bakola bino ku musaale omubisi, ku mukalu kiribba kitya?32Era yatwaliibwe n'abandi babiri, abaakolere Obubbiibi, okwitibwa awamu naye.33Awo bwe baatuukire mu kifo ekyetebwa kiwanga, ne bamukomererera awo, na badi abaakola Obubbiibi, omumu ku mukono muliiro n'ogondi ku mugooda. 34Awo Yesu n'akoba nti Itawange, basonyiwe; kubanga tebamaite kye bakola. Ne bagabana ebivaalo bye, nga bakubba akalulu.35Abantu ne bayemerera nga balingirira. Abakungu boona ne bamusekerera nga bakoba nti Yalokolanga bandi yeerokole yenka, oba ng'oyo niiye Kristo wa Katonda, omulonde we.36Basirikale boona ne bamuduulira nga baiza w'ali, nga bamuwa omwenge omukaatuuki, 37nga bakoba nti Oba nga niiwe Kabaka w'Abayudaaya, weerokole wenka. 38Ne wabbaawo n'ebbaluwa waigulu we nti ONO NIIYE KABAKA W’ABAYUDAAYA.39Omumu ku abo abaakolere obubbiibi abaawanikiibwe n'amuvuma ng’agoba nti Ti niiwe Kristo? Weerokole wenka naife. 40Naye ow'okubiri n'airamu n'amunenya, n’akoba nti N'okutya totya Katonda, kubanga oli ku kibonerezo kimu naye? 41Era ife twalangiibwe nsonga; kubanga ebisaaniire bye twakolere bye tusasulibbwa: naye ono takolanga kigambo ekitasaana.42N'akoba nti Yesu, onjijukiranga bw'oliizira mu bwakabaka bwo. 43Yesu n'amukoba nti Mazima nkukoba nti Leero wabba nanze mu Lusuku lwa Katonda.44Awo obwire bwabbaire butuukire essaawa nga mukaaga, ne wabba endikirirya ku nsi yonayona okutuusia esaawa mwenda, 45eisan obutayaka: n'eigigi ery'omu yeekaalu ne rikanukamu wakati.46Awo Yesu n’atumulira n'eidoboozi inene, n'akoba nti Itawange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo: bwe yamalire okutumula ekyo, n'awaayo obulamu. 47Awo omwami w'ekitongole bwe yaboine ekibbairewo, n'atendereza Katonda, ng'akoba nti Mazima ono abbaire muntu mutuukirivu.48N'ebibiina byonabyona ebyabbaire bikuŋaanire okwebonera, bwe baboine ebibbairewo ne bairayo nga beekubba mu bifubba. 49Ne mikwanu gye gyonagyona, n'abakali abaaviire naye e Galiraaya, ne bayemerera wala nga babona ebyo.50Kale bona, omuntu eriina lye Yusufu, eyabbaire omukungu, omuntu omusa era omutuukirivu 51oyo teyaikiriirye kimu mu kuteesia kwabwe waire mu kikolwa kyabwe, ow'e Alimasaya, ekibuga ky'Abayudaaya, eyabbaire alindirira obwakabaka bwa Katonda:52oyo n'ayaba ewa Piraato, n'asaba omulambo gwa Yesu. 53N'aguwanula n'aguzinga mu lugoye olwe bafuta, n'amuteeka mu ntaana eyabaiziibwe mu mu ibbaale, omutateekebwanga muntu.54Kale lwabbaire lunaku lwa Kuteekateeka, sabbiiti nga yaabbaaku eizo. 55N'abakali be yaviire nabo e Galiraaya, ne basengererya, ne babona entaana, n'omulambo gwe bwe gwateekeibwe. 56Ne baira, ne bategeka eby'akaloosa n'amafuta ag'omusita. No ku lunaku olwa sabbiiti ne bawumula ng'eiteeka bwe liri.
1Awo ku lunaku olw'oluberyeberye ku naku omusanvu, mu matulutulu amakeeri, ne baiza ku ntaana ne baleeta eby'akaloosa bye baategekere. 2Ne babona eibbaale nga liyiringisiibwe okuva ku ntaana. 3Ne bayingiramu, ne batasanga mulambo gwa Mukama waisu Yesu.4Awo olwatuukire bwe babbaire basamaalirire olw'ekyo, bona, abantu babiri ne bemerera we babbaire, nga bavaire engoye egimasamasa; 5awo bwe babbaire batyaime, nga bakutamire amaiso gaabwe, ne babakoba nti Kiki ekibasagirisya omulamu mu bafu?6Abulawo wano, naye azuukiire: mwijukire bwe yatumwire naimwe ng'a akaali mu Galiraaya, 7ng'abakoba nti Kigwanira Omwana w'omuntu okuweebwayo mu mikono gy'abantu abalina ebibbiibi, n'okukomererwa, no ku lunaku olw'okusatu okuzuukira.8Awo ne baijukira ebigambo bye, 9ne bava ku ntaana ne bairayo, ebyo byonabyona ne babikobera badi eikumi n’omumu, n'abandi bonabona. 10Babbaire Malyamu Magudaleena, no Yowaana, ne Malyamu maye wa Yakobo: n'abakali abandi wamu nabo ne babuulira abatume ebigambo ebyo.11Ebigambo ebyo ne bifaanana mu maiso gaabwe nga byo busirusiru; ne bataikirirya. 12Naye Peetero n'agolokoka n'airuka ku ntaana; n'akutama n'alengimezia n'abonamu ebiwero ebya bafuta, nga biri byonka; n'aira ewuwe, nga yeewuunya ebibbairewo.13Awo bona, ku lunaku olwo, babiri ku ibo babbaire nga baaba mu mbuga eriina lyayo Emawu, eyabbaire ewalaku ne Yerusaalemi, sutadyo nkaaga. 14Ne baloogya bonka na bonka ebyo byonabyona ebibbairewo.15Awo olwatuukire babbaire nga banyumya nga beebuulyagana, Yesu mweene n'abasemberera, n'ayaba wamu nabo. 16Naye amaiso gaabwe ne gazibibwa baleke okumutegeera.17N'abakoba nti Bigambo ki bye mubuulyagana nga mutambula? Ne bayemerera nga bawooteire. 18Omumu ku ibo eriina lye Kulyoppa n'airamu n'amukoba nti Iwe ogona wenka mu Yerusaalemi atamaite ebyabbairemu mu naku gino?19N'abakoba nti Bigambo ki? Ne bamugamba nti Ebya Yesu Omunazaaleesi, eyabbaire nabbi ow'amaani mu bye yakoleranga ne bye yatumulanga mu maiso ga Katonda no mu g'abantu bonabona: 20na bakabona abakulu n'abakungu baisu bwe bamuwaireyo okumusalira omusango ogw'okumwita, ne bamukomerera.21Naye ife twabbaire tusuubira nti niiye alinunula Isiraeri. Ate ne ku bino byonabyona, Atyanu giino enaku isatu ebigambo bino kasookede bibbaawo.22Era n'abakali abamu ab'ewaisu batuwuniikiriirye, abawine okwaba ku ntaana; 23bwe bataasangire mulambo gwe, ne baiza ne bakoba nti baboine okwolesebwa kwa bamalayika abakobere nti mulamu. 24N'abamu ku abo ababbaire naife babire ku ntaana, ne basanga bwe batyo ng'abakali bwe bakobere, naye ne batamubona.25Kale iye n'abakoba nti Imwe abasirusiru, abagayaavu mu myoyo okwikirirya byonabyona banabbi bye batumulanga; 26tekyagwaniire Kristo okubonyaabonyezebwa ebyo, kaisi ayingire mu kitiibwa kye? 27N'asookera ku Musa neoku banabbi bonabona, n'abategeeza mu byawandiikiibwe ebyo byonabyona ebyamuwandiikiirwe iye.28Ne basembera kumpi n'embuga gye babbaire baaba: iye n'abba ng'ababitya okwaba mu maiso. 29Ne bamuwalirizia nga bakoba nti Tyama naife: kubanga obwire bwaba kuwungera, n'eisana liikiriire atyanu. N'ayingira okutyama nabo.30Awo olwatuukire yabbaire atyaime nabo ku mere, n'atoola omugaati n'agwebalya, n'agumenyamu n'abawa. 31Amaiso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera; n'agoteraawo ibo obutamubona. 32Ne beebuulyagana nti Emyoyo gyaisu tegyabbaire nga gitutyemuka mukati mwaisu, bwe yabbaire atumula naife mu ngira, ng'atubikulira ebyawandiikiibwe?33Ne bayimuka mu kiseera ekyo ne baira e Yerusaalemi, ne basanga eikumi n'omumu, n'abo be babbaire nabo, nga bakuŋaanire 34nga bakoba nti Mazima Mukama waisu azuukiire era abonekeire Simooni. 35Nabo ne babanyonnyola bidi eby'omu ngira, no bwe yategeerekekere gye bali olw'okumenyamu omugaati.36Awo babbaire nga bakaali batumula ebyo, iye mweene n'ayemerera wakati waabwe, n'abakoba nti Emirembe gibbe mu mwe. 37Naye ne beekanga ne batya, ne balowooza nti babona muzimu.38N'abakoba nti Ekibeeraliikirirya kiki? N'okubuusabuusa kwiziira ki mu myoyo gyanyu? 39Mubone engalo gyange n'ebigere byange, nga niinze ono mwene: munkwateku mubone; kubanga omuzimu gubula nyama na magumba, nga bwe mubona nze bwe ndi nabyo. 40Bwe yamalire okutumula ekyo, n'abalaga engalo gye n'ebigere.41Awo bwe babbaire bakaali kwikirirya olw'eisanyu, nga beewuunya, n'abakoba nti Mulina ekiriibwa wano? 42Ne bamuwa ekitundu eky'ekyenyanza ekyokye. 43N'akitoola n'akiriira mu maiso gaabwe.44N'abagamba nti Bino niibyo ebigambo byange bye nababuuliire, nga nkaali naimwe, bwe kigwanira byonabyona okutuukirizibwa, ebyawandiikiirwe nze mu mateeka ga Musa, no mu banabbi, no mu zabbuli.45Kaisi n'abikula amagezi gaabwe, bategeere ebyawandiikiibwe; 46n'abakoba nti kityo bwe kyawandiikiibwe Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu ku lunaku olw'okusatu; 47era amawanga gonagona okubuulirwanga okwenenya n'okutoolebwaku ebibbiibi mu liina lye, okusookera ku Yerusaalemi.48Niimwe bajulirwa b'ebyo. 49Era bona, mbaweererya imwe okusuubiza kwa Itawange: naye mubbe mu kibuga okutuusia lwe mulivaalisibwa amaani agava waigulu.50N'abatwala ewanza n'abatuukya e Bessaniya: n'ayimusia emikono gye n'abawa omukisa. 51Awo olwatuukire ng'akaali abawa omukisa, n'abaawukanaku, n'atwalibwa mu igulu.52Boona ne bamusinza, ne baira e Yerusaalemi n'eisanyu lingi: 53ne babanga mu yeekaalu buliijo, nga beebalya Katonda.
1Kabonaasingaobukulun'atumulantiEbyobwebiribityo? 2Suteefanon'akobantiAbasaizaab'olugandaerabasebo,muwulire.Katondaow'ekitiibwa yabonekeirezeizawaisuIbulayimung'alieMesopotamiya,ngaakaalikubbaKalani, 3n'amukobantiVamunsiyanyinomukikakyo,oyabemunsigyendikulaga.4Awon'avamunsiy'Abakaludaaya,n'abbamuKalani:oluvanyumaitaayebweyamalireokufa, n'amutoolayon'amuleetamunsienomwemutyaimeimweatyanu; 5soteyamuwairebutakamunowaireawaninibwaekigere:n'asuubiziaokugimuwaokugitoola, iyen'eizairelyeoluvanyumalwe,ngakaalinokumuwamwana.6Katondan'atumulirawakatiating'eizairelyebalibabagenyimunsiy'abandi;balibafuulaabaidu, balibakoleraObubbiibiemyakabina. 7N'eigwangaeriribafuulaabaidunzendisalaomusangogwalyo,bweyatumwireKatonda: n'oluvanyumabalivaayobalinsinziziamukifokino. 8N'amuwaendagaanuey'okukomola:awoIbulayimun'azaalaIsaaka,n'amukomolerakulunaku olw'omunaana:neIsaakan'azaalaYakobo:neYakobon'azaalabazeizaabakulueikumin'ababiri.9BazeizaabakulubwebaakwatiirweYusufueiyalinebamutundamuMisiri.Katondan'abbanga naye, 10n'amulokolamunakugyegyonagyona,n'amuwaokuganjan'amagezimumaisogaFalaawo kabakaw’eMisiri,n'amufuulaomufuzimuMisirinomunyumbayeyonayona.11Enjalan'egwakunsiyonayonaey'eMisirin'eyaKanani,n'enakunyingi,sonebatabonamere bazeizabaisu. 12NayeYakobobweyawuliireng'emereenkalueriMisiri,n'atumabazeizabaisuomulundi ogw'oluberyeberye: 13n'omulundiogw'okubiriYusufubagandenebamutegeera:ekikakyaYusufunekimanyibwa Falaawo.14Yusufun'atuman'ayetaYakoboItaayenabagandebonabona,abantunsanvunabataanu. 15Yakobon'aikiriraeMisiri,n'afiirayo,iyenabazeizabaisu; 16nebatwalibwaeSekemu;nebaziikibwamuntaanaIbulayimugyeyagulireomuwendo gw'efeezakubaanabaKamolimuSekemu.17NayeNg'ebiseeraeby'okusuubiziabwebyabbaireokumpi,KatondakweyayatuliireIbulayimu, abantunebeeyongeranebaalamuMisiri, 18okutuusiakabakaogondilweyabbairewokuMisiriataamanyireYusufu. 19Oyobweyasaliireamagezieigwangalyaisu,n'akolaObubbiibibazeizabaisu, ng'abasuuziangaabaanabaabweabawerebalekeokubbaabalamu.20MubiseeraebyoMusan'azaalibwa,n'abbamusaeriKatonda,nebamuliisiryaemyeziisatu munyumbayaitaaye. 21Bweyasuuliibwe,muwalawaFalaawon'amutwalan'amulerang'omwanawe.22Musan'ayigirizibwamumagezigonagonaag'eMisiri;n'abbawamaanimubigambobyeno mubikolwabye. 23Nayeobukulubweyabbairealikumpiokutuusiaemyakaana,n'alowoozamumwoyogwe okubonabagande,abaanabaIsiraeri. 24BweyaboineomuntuakolwaObubbiibi,n'amutaasia,n'amuwooleraeigwangaomuntu eyabbaireakolwaObubbiibi,n'akubbaOmumisiri. 25N'alowoozantibagandabebategeerangaKatondaayabaokubawaobulokozimumikono gye:nayetebaategeire.26Atekulunakuolw'okubirin'abasangangabalwana,n'ageziakuokubatabaganya,ng'akobanti Abasaiza,imwemuliboluganda:kikiekibakoziaObubbiibimwenkanamwenka? 27NayeodieyabbaireakolamwinayeObubbiibin'amusindikaedi,ng'akobantiYanieyakufiire iweomukulun'omulamuziwaisu? 28OtakakungitanzengabwewaitireOmumisirieizo?29Musan'airukaolw'ekigamboekyo,n'abbamugenimunsiyaMidiyaani,gyeyazaaliireabaana babiriab'obulenzi. 30Awoemyakaanabwegyatuukire,malayikawaMukaman'amubonekeramunimigy'omusyo ngagwakamukisaka,bweyabbairemuidungukulusoziSinaayi. N'afukamiran'akungan'eidobooziinenentiMukamawange,tobabalirakibbiibikino.Bwe yamalireokutumulaebyon'agona.31Musabweyaboineneyeewuunyaky'aboine.Bweyasembeireokwetegerezia,newabbaawo eidoboozilyaMukamanti 32NiinzeKatondawabazeizabo,KatondawaIbulayimu,eraowaIsaaka,eraowaYakobo. Musan'akankana,soteyagumirekulingirira.33Mukaman'amukobantiSumululaengaitoegirimubigerebyo:kubangamukifowano w'oyemereirewatukuvu. 34OkkubonamboineokukolwaObubbiibiabantubangeabalimuMisiri,nempuliraokusinda kwabwe,nenjikaokubawonya.Kale atyanuiza,nakutumamuMisiri.35OyoMusagwebaagainengabakobantiYanieyakufiireomukulueraomulamuzi?oyo Katondagweyatumireokubbaomukulueraomununuzimumukonogwamalayika eyamubonekeiremukisaka. 36Oyon'abaggyawobweyamalireokukolaamageron'obuboneromuMisiri,nomuNyanza Emyufu,nemuidunguemyakaana. 37OyoniiyeMusaodieyakobereabaanabaIsiraerintiKatondaalibaleeteranabbialivamu bagandebanyunganze.38Oyoniiyeyabbairemukanisamuidungu,wamunomalayikaeyayogereranayekulusozi Sinaayi,erawamunabazeizabaisu;eyaweweibweebigamboeby'obulamuokutuwaife: 39bazeizabaisugwebatatakirekuwulira,nayebaamusindiikeedi,nebairayoeMisirimumyoyo gyabwe, 40ngabakobaAloonintiTukolerebakatondaabalitutangira:kubangaMusaoyo,eyatutoiremu nsiy'eMisiri,tetumaiteky'abbaire.41Nebakolaenyanamunakugidi,ekifaananyinebakireeterasadaaka,nebasanyukiraemirimu gy'emikonogyabwe. 42NayeKatondan'akyuka,n'abawaayookusinzangaeigyeery'omuigulu;ngabwe kyawandiikiibwemukitabokyabanabbintiMwampeeranganzeensoloegyaitibwangane sadaakaEmyakaanamuidungu,enyumbayaIsiraeri?43NemusitulaeweemayaMoloki,N'emunyenyeyakatondaLefani,Ebifaananyibyemwakolere okubisinzanga:Nzeenandibatwalaenyumaw’eBabbulooni.44N'eweemaey'obujulirwayabbairenabazeizabaisumuidungu,ngabweyalagiireeyakobere Musaokugikolang'engerigyeyaboinebweyabbaire: 45bazeizabwebagiweweibwenebagireetawamunoYoswabwebaliireamatwale g'ab'amawanga,Katondabeyagobangamumaisogabazeizabaisuokutuusyamunakugya Dawudi; 46eyasiimiibwemumaisogaKatonda,n'asabaokumusagiriraaw'okutyamisyaKatondawa Yakobo.47NayeSulemaanin'amuzimbiraenyumba. 48NayeAliwaigulueinutatyamamunyumbaegyakoleibwen'emikono;nganabbibw'atumula nti 49Eiguluniiyoentebeyange,N'ensiniiyoentebey'ebigerebyange:Nyumbakigyemulinzimbira? bw'atumulaMukama:Obakifokimwendiwumulira? 50Omukonogwangetiniigwogwabikolereebyobyonabyona?51Imweabalinaeikotieikakanyavu,abatakomolebwamumyoyonomumatu,imwemuziyizia buliijoOmwoyoOmutukuvu;ngabazeizabanyu,Mweenamutyo. 52Nabbikigwebataayigganyiryebazeizabanyu?Baitangaabaasookereokubuuliraebigambo eby'okwizakweOmutuukirivu,gwemumalireokuwaayoatyanuokumwita; 53imweabaaweweibweamateekangabwegaalagirwabamalayika,sotemwagakwaite.54Awobwebaawuliireebyonebalumwamumyoyogyabwe,nebamulumiraensaya. 55NayebweyaizwireOmwoyoOmutukuvu,n'akaliriziaamaisomuigulu,n'abonaekitiibwakya Katonda,noYesung'ayemereirekumukonoomuliiroogwaKatonda; 56n'akobantibona,ningiriireeigulungalibikukiren'Omwanaw'Omuntung'ayemereireku mukonoomuliiroogwaKatonda.57NebaleekaanaN'eidobooziinene,nebazibaamatugaabwe,nebamweyiwakun'omwoyo gumu, 58nebamusindiikiriryaewanzaw'ekibuga,nebamukubbaamabbaale.Abajulizinebateeka engoyegyabwekubigereby'omulenzi,eriinalyeSawulo.59NebakubbaamabbaaleSuteefanobweyasabiiren'akobantiMukamawangeYesu,twala omwoyogwange. 60N'afukamiran'akungan'eidobooziinenentiMukamawange,tobabalirakibbiibikino.Bwe yamalireokutumulaebyon'agona.
1Pawulo, omwidu wa Yesu Kristo, eyayeteibwe okubba omutume, eyayawuliirwe enjiri ya Katonda, 2gye yasuubizirye eira mu banabbi be mu byawandiikiibwe ebitukuvu, 3ebigambo ebitumula ku Mwana we, eyazaaliibwe mu izaire lya Dawudi mu mubiri,4eyalagiibwe okubba Omwana wa Katonda mu maani, mu mwoyo gw'obutukuvu, olw'okuzuukira kw'abafu, Yesu Kristo Mukama waisu, 5eyatuweeserye ekisa n'obutume olw'okuwulira okuva mu kwikirirya mu mawanga gonagona, olw'eriina lye; 6era mweena muli mu ibo, abayeteibwe okubba aba Yesu Kristo:7eri bonabona abali mu Rooma, abatakibwa Katonda, abayeteibwe okubba abatukuvu: ekisa kibbe naimwe n’emirembe ebiva eri Katonda Itawaisu no Mukama waisu Yesu Kristo.8Okusooka, nebalya Katonda wange ku bwa Yesu Kristo ku lwanyu mwenamwena, kubanga okwikirirya kwanyu kubuulirwa mu nsi gyonagyona. 9Kubanga Katonda niiye mujulizi wange, gwe mpeerezia mu mwoyo gwange mu njiri y'Omwana we, bwe ntumula ku imwe obutamala, 10nga neegayirira buliijo mu kusaba kwange kaisi ntambulibwe kusa ne atyanu, Katonda bw'ataka, okwiza gye muli.11Kubanga mbalumirwa okubabona, kaisi mbawe ku kirabo eky'omwoyo, kaisi munywezebwe: 12niikwo kusanyukagana awamu naimwe olw'okwikirirya kwanyu n'okwange.13Era, ab'oluganda, tintaka muleke kumanya ng'emirundi mingi nalowoozanga okwiza gye muli (ne nziyizibwanga okutuusia atyanu), era kaisi mbeeku n'ebibala mu imwe, era nga mu mawanga agandi. 14Abayonaani era na banaigwanga, ab'amagezi era n'abasirusiru, bamanja. 15Era kyenva ntaka okubabuulira enjiri mweena abali mu Rooma nga bwe nyinza.16Kubanga enjiri tenkwatisia nsoni: kubanga niigo amaanyi ga Katonda olw’okulokola eri buli aikirirya okusookera Muyudaaya era n'eri Omuyonaani. 17Kubanga mu iyo obutuukirivu bwa Katonda bubikuliwa obuva mu kwikiriya okutuusia mu kwikirirya: nga bwe kyawandiikibwe nti Naye omutuukirivu yabbanga mulamu lwo kwikirirya.18Kubanga obusungu bwa Katonda bubikuliwa okuva mu igulu ku butatya Katonda bwonabwona n'obutabba no butuukirivu obw'abantu abaziyiza amazima mu butabba no butuukirivu; 19kubanga ebya Katonda ebimanyika biboneka eri ibo: kubanga Katonda yababoneserye.20Kubanga ebibye ebitaboneka okuva ku kutonda ensi bibonekera dala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutawaawo n'obwakatonda bwe; babbe nga babula kyo kuwozya: 21kubanga, bwe baamanyire Katonda, ne batamugulumizianga nga Katonda waire okumwebalyanga, naye ne basengereryanga ebibulamu mu mpaka gyabwe, omwoyo gwabwe omusirusiru ne guzikirizibwa.22Bwe beeyetere ab'amagezi, so nga baasiriwala, 23ne bawaanyisia ekitiibwa kya Katonda atawaawo okufaanana ekifaananyi ky'omuntu awaawo, n'eky'ebibuuka n'eky'ebirina ebigere ebina n'eky'ekuusa.24Katonda kyeyaviire abawaayo eri obugwagwa mu kwegomba kw'emyoyo gyabwe, okwonoonanga ekitiibwa ky'emibiri gyabwe bonka na bonka: 25kubanga amazima ga Katonda baagawaanyisiamu obubbeyi, ne basinzanga ne baweerezanga ekitonde okusinga Omutondi, eyeebazibwa emirembe n'emirembe, Amiina.26Katonda kyeyaviire abawaayo eri okukwatibwa okw'ensoni: kubanga abakali baabwe baawaanyisa ekikolwa kyabwe eky'obuzaaliranwa ne bakifuula ekitali kyo buzaaliranwa: 27era n'abasaiza batyo, bwe baaleka ebikolwa eky'omukali eky'obuzaaliyanwa, ne baikanga mu kwegomba kwabwe bonka na bonka, Abasaiza na'basaiza nga bakolagananga ebitasaana, era nga baweebwanga mu ibo bonka empeera eyo eyasaaniire akwonoona kwabe.28Era nga bwe bataikirilya kubba no Katonda mu magezi gaabwe, Katonda yabawaireyo eri omwoyo ogutaikirizibwa, okukolanga ebitasaana;29nga baizwire obutabba no butuukirivu bwonabwona, obubbiibi, okwegomba, eitima; nga baizwire eiyali, obwiti, okutongana, obukuusa, enge; abageya, 30abalyolyoma, abakyawa Katonda, ab'ekyeju, ab'amalala, abeenyumirizia, abayiiya ebigambo ebibbiibi, abatawulira bazaire baabwe, 31ababula magezi, abaleka endagaanu, abatatakagana, ababula kusaasira:32abamanyire omusango gwa Katonda, nti abakola ebyo basaaniire kufa, tebabikola bukoli, era naye basiima ababikola.
1Kyova oleka okubba n'eky'okuwozia, iwe buli muntu anenya: kubanga ky'onenya mwinawo, weenenyezia dala wenka; kubanga iwe anenya okola biibyo. 2Era tumaite ng'okunenya kwa Katonda nga kwa mazima ku abo abakola batyo.3Iwe omuntu, anenya abakola batyo weena n'okola ebyo, olowooza ng'olirokoka mu kunenya kwa Katonda? 4Obba onyoomere obugaiga bw'obusa bwe n'obuwombeefu n'okugumiinkirizia, nga tomaite ng'obusa bwa Katonda bukuleeta mu kwenenya?5Naye nga bw'olina obukakanyavu n'omwoyo oguteenenya, wegisira obusungu obulibba ku lunaku olw'obusungu omusango ogw'ensonga gwa Katonda niikwo kwe gulibikukira; 6alisasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe byabbaire: 7abasagira ekitiibwa n'eitendo n'obutawaawo mu kugumiinkiriza nga bakola busa alibasasula obulamu obutawaawo:8naye ku abo abatongana n'abatawulira mazima, naye bawulira obutali butuukirivu kulibba obusungu n'obukambwe, 9okubonyaabonyezebwa n'okulumizibwa ku buli bulamu bw'omuntu akola obubbiibi, okusookera ku Muyudaaya era no ku Muyonaani:10naye ekitiibwa n'eitendo n'emirembe ku buli akola okusa, okusookera ku Muyudaaya era no ku Muyonaani: 11kubanga Katonda tasosola mu bantu. 12Kubanga bonabona abaayonoonanga awabula mateeka, era baligota awabula mateeka: era bonabona abaayonoonanga nga balina amateeka, balisalirwa omusango n'amateeka;13kubanga abawulira obuwuliri amateeka ti niibo abatuukirivu eri Katonda, naye abakola eby'amateeka niibo baliweebwa obutuukirivu 14kubanga ab'amawanga ababula mateeka bwe bakola mu buzaaliranwa eby'amateeka, abo, bwe batabba na mateeka, niibo abeebbeerera amateeka bonka:15kubanga balaga omulimu gw'amateeka nga gwawandiikiibwe mu myoyo gyabwe, omwoyo gwabwe nga gutegeeza wamu, n’ebirowoozo byabwe nga biroopagana oba nga biwoziagana byonka na byonka; 16ku lunaku Katonda kw'alisalira omusango gw'ebyama by'abantu ng'enjiri yange bw'eri, ku bwa Yesu Kristo.17Naye iwe bw'oyetebwa Omuyudaaya, ne weesigika ku mateeka ne weenyumiririzia mu Katonda 18n'omanya by'ataka, n'osiima ebisinga obusa, ng'oyigirizibwa mu mateeka, 19ne weetegeera iwe okubba omusaale w'abawofu b'amaiso, omusana gw'abadi mu ndikirirya, 20omulagirizi w'ababula magezi, omwegeresya w'abaana abatobato ng'olina eky'okuboneraku eky'amagezi n'eky'amazima mu mateeka21kale iwe ayegeresya ogondi teweeyegeresya wenka? abuulira obutaibbanga, oibba? 22oyenda obutayendanga, oyenda? akyawa ebifaananyi, oibba eby'omu biigwa23Eyenyumirizia mu mateeka olw'okusobya amateeka oswaza Katonda? 24Kubanga eriina lya Katonda livoolebwa mu b'amawanga ku lwanyu, nga bwe kyawandiikiibwe.25Kubanga okukomolebwa kugasa bw’okwata amateeka: naye bw’oba omusobya w'amateeka okukomolebwa kwo kufuukire butakomolebwa. 26Kale atali mukomole bw'akwata ebiragiro ebiri mu mateeka, obutakomolebwa bwe tebulibalibwa kubba kukomolebwa? 27era atali mukomole mu buzaaliranwa, bw'atuukirilya amateeka, alikusalira musango iwe, omusobya w'amateeka, ng'olina enyukuta n'okukomolebwa?28Kubanga Omuyudaaya ow'okungulu ti niiye Muyudaaya; so n'okukomolebwa kw'omubiri okw'okungulu ti niikwo kukomolebwa: 29naye Omuyudaaya ow'omukati niiye Muyudaaya; n’okukomolebwa niikwo kw'omumwoyo, mu mwoyo, ti mu nyukuta; atatenderezebwa bantu, wabula Katonda.
1Kale Omuyudaaya asinga atya? oba n'okukomolebwa kugasa ki? 2Kugasa inu mu bigambo byonabyona: eky'oluberyeberye kubanga bagisisiibwe Katonda bye yatumwire.3Kubanga kibba ki abamu bwe batabba no kwikirirya, obutaikirirya bwabwe bulitoolawo obwesigwa bwa Katonda? 4Kitalo: Bbe, Katonda abbenga wa mazima, naye buli muntu abbenga mubbeyi; nga bwe kyawandiikiibwe nti Obbe n'obutuukirivu mu bigambo byo, Osinge bw'osalirwa omusango.5Naye obutali butuukirivu bwaisu niibwo butenderezesia obutuukirivu bwa Katonda, twatumula tutya? Katonda abula butuukirivu aleeta obusungu? (Ntumula mu buntu.) 6Kitalo: kubanga, (bwe kiba kityo), Katonda alisalira atya ensi omusango?7Naye amazima ga Katonda bwe geeyongera okuboneka okw'obubbeyi bwange iye n'aweebwa ekitiibwa, nze kiki ekinsalirya omusango ate ng'omwonooni 8era kiki ekituloberya okutumula (nga bwe tuwaayirizibwa, era ng'abamu bwe batumula nti tukoba) nti Tukolenga ebibbiibi, ebisa kaisi bize? abo okusalirwa omusango kwe nsonga.9Kale kiki? Ife gisangire okusinga ibo? Bbe n'akatono: kubanga tusookere okuwaabira Abayudaaya era n'Abayonaani nti bonabona bafugibwa kibbiibi;10nga bwe kyawandiikiibwe nti wabula mutuukirivu n'omumu;11Wabula ategeera, Wabula asagira Katonda; 12Bonabona baakyama, baafuuka abatasaana wamu; Wabula akola obusa, wabula n'omumu;13Omumiro gwabwe niiyo entaana eyasaamiriire; Babbeya n'enimi gyabwe; Obusagwa bw'embalasaasa buli wansi w'eminwa gyabwe: 14Omunwa gwabwe gwizwire okukolima n'okukaawa:15Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi; 16Okuzikirira n'obunaku biri mu mangira gaabwe; 17So tebamanyanga ngira y'emirembe: 18Wabula kutya Katonda mu maiso gaabwe.19Naye tumaite nga byonabyona amateeka bye gatumula, gakoba abo abalina amateeka; buli munwa gwonagwona guzibibwe, n'ensi gyonagyona gibbeeku omusango eri Katonda: 20kubanga olw'ebikolwa by'amateeka alina omubiri yenayena taliweebwa butuukirivu mu maiso ge: kubanga amateeka niigo agamanyisia ekibbiiibi.21Naye atyanu awabula mateeka obutuukirivu bwa Katonda, obutegeezebwa amateeka na bannabbi, bubonesebwa; 22niibwo butuukirivu bwa Katonda olw'okwikirirya Yesu Kristo eri bonabona abaikirirya; kubanga wabula njawulo;23kubanga bonabona baayonoonere, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda; 24naye baweweibwe obutuukirivu bwo buwi lwe kisa kye olw'okununulibwa okuli mu Kristo Yesu:25Katonda gwe yateekerewo okubba omutango, olw'okwikirirya omusaayi gwe, okulaga obutuukirivu bwe, olw'okuleka ebibbiibi ebyakolebwanga eira, Katonda ng'agumiinkirizia; 26okulaga obutuukirivu bwe mu biseera bino: kaisi abbe omutuukirivu era ng'awa obutuukirivu aikirirya Yesu.27Kale okwenyumirizia kuli waina? Kwaziyiziibwe. Kwaziyiziibwe n'amateeka gafaanana gatya? ge bikolwa? Bbe: naye n'amateeka go kwikirirya. 28Kyetuva tubala ng'omuntu aweebwa obutuukirivu lwo kwikirirya awabula bikolwa byo mu mateeka.29Oba Katonda, Katonda wa Bayudaaya? era ti Katonda wa ba mawanga? Niiwo awo, era wa ba mawanga: 30oba nga Katonda ali mumu, aliwa obutuukirivu abakomole olw'okwikirirya, n'abatali bakomole olw'okwikirirya.31Kale amateeka tugatoolawo olw'okwikirirya? Kitalo: Bbe, tuganywezia bunywezi
1Kale kiki kye twatumula Ibulayimu zeiza waisu mu mubiri kye yaboine. 2Kubanga Ibulayimu singa yaweweibwe obutuukirivu olw'ebikolwa, singa alina ekimwenyumirizisia; naye abula mu maiso ga Katonda. 3Kubanga ebyawandiikibwa bitumula bitya? Ibulayimu n'aikirirya Katonda, ne kumubalirwa okubba obutuukirivu.4Kale, omukozi empeera ye temubalirwa lwe kisa, naye ng'eibbanja. 5Naye atakola, kyoka n'aikirirya oyo awa obutuukirivu abatatya Katonda, okwikirirya kwe kumubalirwa okubba obutuukirivu.6Era nga Dawudi bw'ayatumwire omukisa gw'omuntu, Katonda gw'abalira obutuukirivu awabula bikolwa, nti 7Baweweibwe omukisa abatoleibweku ebyonoono byabwe, Ebibbiibi byabwe byabikiibweku. 8Aweweibwe omukisa omuntu Mukama gw'atalibalira kibbiibi.9Kale omukisa ogwo guli ku bakomole bonka, oba nantiki ku abo abatali bakomole? Kubanga tukobere nti okwikirirya kwe kwabailirwe Ibulayimu okubba obutuukirivu. 10Kale kwabalirwe kutya? bwe yabbaire ng'akomoleibwe, nantiki bwe yabbaire ng'akaali kukomolebwa? ti bwe yabbaire ng'akomoleibwe, naye ng'akaali kukomolebwa:11n'aweebwa ekyokuboneraku eky'okukomolebwa, akabonero k'obutuukirivu obw'okwikirirya kwe yabbaire ng'akaali kukomolebwa: kaisi abbe nga zeiza wabwe bonabona abaikirirya nga ti bakomole, babalirwenga obutuukirivu; 12era ni zeiza w'abakomole, so ti w'abo abakomole obukomoli, naye, abatambulira mu bigere by'okwikirirya kwa zeiza waisu Ibulayimu kwe yabbaire nakwo ng'akaali kukomolebwa.13Kubanga okusuubizia tekwaweibwe Ibulayimu waire eizaire lye mu mateeka, nti alibba musika we nsi gy'onagyona, wabula mu butuukirivu abw'okwikirirya. 14Kubanga ab'omu mateeka singa niibo basika, okwikirirya singa kudibire, era n'okusuubizia singa kutooleibwewo: 15kubanga amateeka galeeta obusungu; naye awabula mateeka, era tewabbaawo kwonoona.16Kyekuva kuva mu kwikirirya, kaisi kubbenga kwe kisa, okusuubizia kaisi kugume eri eizaire lyonalyona, ti eri ab'omu mateeka bonka, naye era n'eri ab'omu kwikirirya kwa Ibulayimu, niiye zeiza waisu fenafena 17(nga bwe kyawandiikiibwe nti Nkufiire zeiza w'amawanga amangi) mu maiso g'oyo gwe yaikirirye, niiye Katonda, azikizya abafu, era ayeta ebibulawo ng'ebiriwo.18Eyaikirirye mu isuubi awatasuubirikika, kaisi abbenga zeiza w'amawanga amangi, nga bwe kyatumwirwe nti Eizaire lyo liribba lityo. 19N'atanafuwa mu kwikirirya bwe yalowoozerye omubiri gwe iye nga gufiire (nga yaakamala emyaka nga kikumi), n'ekida kya Saala nga kifiire:20naye mu kusuubiza kwa Katonda teyabuusirebuusire mu butaikirirya, naye n'afuna amaani olw'okwikirirya, ng'agulumizia Katonda, 21era ng'ategeerera dala nga bye yasuubizirye era asobola n'okubikola. 22Era kyekyaviire kumubalirwa okubba obutuukirivu.23Naye tekyawandiikiibwe ku lulwe yenka nti kwabailirwe; 24naye era ne ku lwaisu, abaaba okubalirwa, abaikiriya oyo eyazukirizirye Yesu Mukama waisu mu bafu, 25eyaweweibwe olw'ebyonoono byaisu n'azuukira olw'okutuweesia obutuukirivu.
1Kale bwe twaweweibwe obutuukirivu olw'okwikirirya, tubbenga n'emirembe eri Katonda ku bwa Mukama waisu Yesu Kristo, 2era eyatuweeserye olw'okwikirirya okutuuka mu kisa kino kye twemereiremu; era twenyumirizienga olw'okusuubira ekitiibwa kya Katonda.3So ti ekyo kyonka, era naye twenyumirizienga mu kubonaabona kwaisu, nga tumaite ng'okubonaabona kuleeta okugumiinkiriza; 4ate okugumiinkiriza kuleeta okukemebwa ate okukemebwa kuleeta okusuubira: 5ate okusuubira tekukwatisia nsoni, kubanga okutaka kwa Katonda kufukiibwe dala mu myoyo gyaisu, ku bw'Omwoyo Omutukuvu gwe twaweweibwe.6Kubanga bwe twabbaire nga tukaali banafu, mu ntuuko gye Kristo yafiiriire abatatya Katonda. 7Kubanga kizibu omuntu okufiirira omutuukirivu; kubanga omusa koizi omuntu aguma n'okumufiirira.8Naye Katonda atenderezesia okutaka kwe iye gye tuli, kubanga bwe twabbaire nga tukaali tulina ebibbiibi Kristo n'atufiirira. 9Kale okusinga einu Atyanu bwe twaweweibwe obutuukirivu olw'omusaayi gwe, twaba kulokoka mu busungu ku bubwe.10Kuba obanga bwe twabbaire tukaali balabe, twatabaganyiziibwe no Katonda olw'okufa kw'Omwana we, okusinga einu bwe twatabaganyiziibwe tulirokoka olw'obulamu bwe; 11so ti ekyo kyonka, era naye nga twenyumiririzia mu Katonda ku bwa Mukama waisu Yesu Kristo, atuweeserya Atyanu okutabagana.12Olw'ebyo, nga ku bw'omuntu omumu ekibbiibi bwe kyayingiire mu nsi, okufa ne kuyingira olw'ekibbiibi, kityo okufa ne kubuna ku bantu bonabona kubanga bonabona baayonoonere: 13kubanga Okutuusia ku mateeka ekibbiibi kyabbaire mu nsi: naye ekibbiibi tekibalibwa, awatabba mateeka.14Naye okufa kwafugire okuva ku Adamu Okutuusia ku Musa, era no ku abo abataasoberye ng'engeri ey'okwonoona kwa Adamu, iye niikyo ekifaananyi ky'oyo ayaba okwiza. 15Naye ng'okwonoona kudi bwe kwabbaire, era n'ekirabo tekyabbaire kityo. Kuba obanga olw'okwonoona kw'omu abaafiire bangi, okusinga einu ekisa kya Katonda n'ekirabo olw'ekisa ky'omuntu odi omumu Yesu Kristo kyasukiriire okubuna abangi.16Era nga bwe kwaizire ku bw'omumu eyayonoonere, ekirabo tekyabbaire kityo: kubanga omusango gwaviire ku mumu okusinga, naye ekirabo ne kiva mu byonoono ebingi okuweesia obutuukirivu. 17Kuba obanga olw'okwonoona kw'omumu okufa kwafugire ku bw'omumu, okusinga einu abo abaweweibwe ekisa ekisukirivu n'ekirabo eky'obutuukirivu balifugira mu bulamu ku bw'oyo omumu Yesu Kristo.18Kale kityo ng'olw'okwonoona kw'omumu omusango bwe gwasingire abantu bonabona kityo n'olw'obutuukirivu bw'omumu ekirabo kyabbaire ku bantu bonabona okuweesia obutuukirivu bw'obulamu. 19Kuba ng'olw'obutawulira bw'omuntu omumu odi abangi bwe baafuukire ababbiibi, kityo n'olw'okuwulira kw'oyo omumu abangi bafuukire batuukirivu.20Era n'amateeka ne gayingira, okwonoona kusukirire; naye ekibbiibi bwe kyasukiriire ekisa ne kisinga okusukirira 21ng'ekibbiibi bwe kyafugiire mu kufa era n'ekisa kityo kaisi kifuge olw'obutuukirivu okuweesia obulamu obutawaawo, ku bwa Yesu Kristo Mukama waisu.
1Kale twatumula tutya? Tunyiikirenga okukola ekibbiibi ekisa kyeyongerenga? 2Kitalo. Abaafa ku kibbiibi, twabbanga tutya abalamu mu ikyo ate? 3Oba Temumaite nga ife fenafena, ababatiziibwe okuyingira mu Kristo Yesu nga twabatiziibwe kuyingira mu kufa kwe?4Kyetwava tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: nga Kristo bwe yazuukiziibwe mu bafu olw'ekitiibwa kya Itaaye, tutyo feena tutambulirenga mu bulamu obuyaka. 5Kuba obanga twagaitiibwe wamu naye mu kifaananyi ky'okufa kwe, era tuligaitibwa no mu kifaananyi ky'okuzuukira kwe6bwe tumanya kino ng'omuntu waisu ow'eira yakomereirwe wamu naye, omubiri gw'ekibbiibi kaisi gutolebwewo, tuleke okubbeeranga ate abaidu b'ekibbiibi; 7kubanga afa nga takaali aliku omusango eri ekibbiibi.8Naye oba nga twafiirire wamu no Kristo, era twikirirya nga tulibba balamu wamu naye; 9bwe tumaite nga Kristo yamalire okuzuukizibwa mu bafu takaali afa ate; okufa tekukaali kumufuga.10Kubanga okufa kwe yafiire, yafiire ku kibbiibi omulundi gumu: naye obulamu bw'alina, ali nabwo eri Katonda. 11Mutyo mweena mwerowoozenga okubba abafa ku kibbiibi, naye abalamu eri Katonda mu Kristo Yesu.12Kale ekibbiibi kirekenga okufuga mu mubiri gwanyu ogufa, okuwuliranga okwegomba kwagwo: 13so temuwangayo bitundu byanyu eri ekibbiibi okubanga eby'okukolya obutali butuukirivu; naye mwewengayo eri Katonda, ng'abaamu abaava mu bafu, n'ebitundu byanyu okubbanga eby'okukolya obutuukirivu eri Katonda. 14Kubanga ekibbiibi tekyabbenga mukama wanyu; kubanga amateeka ti niigo gabafuga, wabula ekisa.15Kale tukole tutya? tukolenga ekibbiiibi, kubanga amateeka ti niigo atufuga, wabula ekisa? Kitalo. 16Temumaite nga gwe mwewa okubba abaidu b'okuwulira, muli baidu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibbiibi okuleeta okufa, oba ab'okuwulira okuleeta obutuukirivu?17Naye Katonda yeebale, kubanga mwabanga baidu b'ekibbiibi, naye mwawuliire mu mwoyo engeri eyo y'okwegeresebwa gye mwaweweibwe; 18kale bwe mwaweweibwe eidembe kuva mu kibbiibi, ne mufuuka abaidu b'obutuukirivu.19Ntumula mu buntu olw'obunafu bw'omubiri gwanyu: kuba nga bwe mwawangayo ebitundu byanyu okubba baidu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, mutyo atyanu muwengayo ebitundu byanyu okubbanga abaidu eri obutuukirivu okutukuzibwa. 20Kubanga bwe mwabbanga abaidu b'ekibbiibi, mwabanga b'eidembe eri obutuukirivu. 21Kale bibala ki bye mwabbaire nakyo mu biseera bidi eby'ebigambo ebibakwatisia ensoni atyanu? kubanga enkomerero yaabyo kufa.22Naye atyanu bwe mwaweweibwe eidembe okuva mu kibbiibi, ne mufuuka abaidu ba Katonda, mulina ebibala byanyu olw'okutukuzibwa, n'enkomerero bulamu obutawaawo. 23Kubanga empeera y'ekibbiibi niikwo kufa; naye ekirabo kya Katonda niibwo bulamu obutawaavo mu Kristo Yesu Mukama waisu.
1Oba temumaite, ab'oluganda (kubanga nkoba abategeera amateeka), ng'amateeka gafuga omuntu ng'akaali mulamu?2Kubanga omukali afugibwa ibaaye ng'akyali mulamu; naye ibaaye bw'afa, ng'asumulwiirwe mu mateeka ga ibaaye. 3Kale kityo ibaaye bw'abba ng'akaali mulamu bweyabbanga n'omusaiza ogondi, yayetebwanga mwenzi: naye ibaaye bw'afa, nga w'obwereere eri amateeka, obutabba mwenzi bw'abba n'omusaiza ogondi.4Kityo bagande bange, era mweena mwafiire ku mateeka olw'omubiri gwa Kristo, mubbe n'ogondi, niiye oyo eyazuukiziibwe mu bafu, kaisi tubalirenga Katonda ebibala. 5Kubanga bwe twabbanga mu mubiri, okwegomba okubbiibi, okuliwo olw'amateeka, kwakolanga mu bitundu byaisu okubaliranga okufa ebibala.6Naye Atyanu twasumulwirwe mu mateeka, bwe twafiire ku ekyo ekyabbanga kitufuga, ife tubbenga abaidu mu iyali obw'omwoyo, so ti mu nyukuta egy'eira.7Kale twatumula tutya? Amateeka niikyo kibbiibi? Kitalo. Naye tinanditegeire kibbiibi, wabula mu mateeka: kubanga tinandimanyire kwegomba, singa amateeka tegatumwire nti Teweegombanga: 8naye ekibbiibi bwe kyaboine we kyeema, ne kikolanga mu nze olw'amateeka okwegomba kwonakwona: kubanga awatabba mateeka ekibbiibi nga kifuukire.9Nzena eira nabbanga mulamu awabula mateeka: naye ekiragiro bwe kyaizire, ekibbiibi ne kizuukira, nzena ne nfa; 10n'ekiragiro ekyabbaire eky'okuleeta obulamu, ekyo ne kiboneka gye ndi eky'okuleeta okufa:11kubanga ekibbiibi, bwe kyaboine we kyeema olw'ekiragiro, ne kimbeya, ne kingita olw'ekyo. 12Kityo amateeka matukuvu, n'ekiragiro kitukuvu, kituukirivu, kisa.13Kale ekisa kyafuukire kufa gye ndi? Kitalo. Naye ekibbiibi kibonekere okubba ekibbiibi, kubanga niikyo kyandeeteire okufa olw'ekisa; ekibi kaisi kyeyongerenga okubba ekibbiibi olw'ekiragiro. 14Kubanga tumaite ng'amateeka niigo g'omwoyo: naye nze ndi w'omubiri, natundiibwe okufugibwanga ekibbiibi.1515 Kubanga kye nkola, tikimaite, kubanga kye ntaka ti niikyo kye nkola; naye kye nkyawa niikyo kye nkola. 16Naye oba nga kye ntataka kye nkola, ngikirirya amateeka nga masa.17Kale atyanu ti ninze nkikola ate, wabula ekibbiibi ekityama mu nze. 18Kubanga maite nga mu nze, niigwo mubiri gwange, temutyama kisa: kubanga okutaka kumba kumpi, naye okukola ekisa wabula.19Kubanga kye ntaka ekisa tinkikola: naye kye ntataka ekibbiibi kye nkola. 20Naye oba nga kye ntataka kye nkola, ti niinze nkikola ate, wabula ekibbiibi ekityama mu nze. 21Kityo mbona eiteeka nti nze bwe ntaka okukola ekisa, ekibbiibi kimba kumpi.22Kubanga nsanyukira amateeka ga Katonda mu muntu ow'omukati: 23naye mbona eiteeka erindi mu bitundu byange nga lirwana n'eiteeka ly'amagezi gange, era nga lindeeta mu bufuge wansi w'eiteeka ly'ekibbiibi eriri mu bitundu byange.24Nze nga ndi muntu munaku! yani alindokola mu mubiri ogw'okufa kuno? 25Neebalya Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waisu. Kale kityo nze nzeka mu magezi ndi mwidu wa mateeka ga Katonda, naye mu mubiri w'eiteeka lye kibbiibi.
1Kale atyanu babulaku musango abali mu Kristo Yesu. 2Kubanga eiteeka ery'Omwoyo gw'obulamu mu Kristo Yesu lyanfiire ow'eidembe okuntoola mu iteeka ly'ekibbiibi n'ery'okufa.3Kubanga amateeka kye gatayinza, kubanga manafu olw'omubiri, Katonda, bwe yatumire Omwana we iye mu kifaananyi ky'omubiri ogw'ekibbiibi era olw'ekibbiibi, n'asalira omusango ekibbiibi mu mubiri: 4obutuukirivu bw'amateeka kaisi butuukirizibwe mu ife, abatatambula kusengererya mubiri, wabula omwoyo. 5Kubanga abasengererya omubiri, balowooza by'omubiri: naye abasengererya omwoyo, byo mwoyo.6Kubanga okulowooza kw'omubiri niikwo kufa; naye okulowooza kw'omwoyo niibwo bulamu n'emirembe: 7kubanga okulowooza kw'omubiri niibwo bulabe eri Katonda; kubanga tekufugibwa mateeka ga Katonda, kubanga n'okusobola tegakusobola: 8n'abo abali mu mubiri tebasobola kusanyusia Katonda.9Naye imwe temuli mu mubiri, wabula mu mwoyo, oba ng'Omwoyo gwa Katonda atyama mu imwe. Naye omuntu bw'atabba na Mwoyo gwa Kristo, oyo ti wuwe. 10Era oba nga Kristo ali mu imwe, omubiri nga gufiire olw'ekibbiibi; naye omwoyo niibwo bulamu olw'obutuukirivu.11Naye oba nga Omwoyo gw'oyo eyazuukizirye Yesu mu bafu atyama mu imwe, oyo eyazuukizirye Kristo Yesu mu bafu, era n'emibiri gyanyu egifa aligifuula emiramu ku bw'Omwoyo gwe atyama mu imwe.12Kale, ab'oluganda, tulina eibbanja: omubiri ti niigwo gutubanja, okusengereryanga omubiri: 13kubanga bwe mwasengereryanga omubiri, mwaba kufa; naye bwe muwafiisianga ebikolwa by'omubiri olw'Omwoyo, mulibba balamu.14Kubanga bonabona abakulemberwa Omwoyo gwa Katonda, abo niibo abaana ba Katonda. 15Kubanga temwaweweibwe ate mwoyo gw'obwidu okutya, naye mwaweweibwe Omwoyo ow'okufuuka abaana, atukungya nti Abba, Itawaisu.16Omwoyo mwene wamu n'omwoyo gwaisu ategeeza nga tuli baana ba Katonda: 17naye bwe tuli abaana, era tuli basika: abasika ba Katonda, era abasikira awamu no Kristo; bwe tubonaabonera awamu, era kaisi tuweerwe wamu ekitiibwa.18Kubanga ng'era ng'okubonaabona okw'omu biseera bya atyanu nga tekutuuka kwenkanyaankanya n'ekitiibwa ekyaba okutubikulirwa ife. 19Kubanga okulingirira einu okw'ebitonde kulindirira okubikulirwa kw'abaana ba Katonda.20Kubanga ebitonde byateekeibwe okufugibwa obubulamu, ti lwo kutaka kwabyo wabula ku bw'oyo eyabifugisirye mu kusuubira nti 21era n'ebitonde byeene byoona biriweebwa eidembe okuva mu kufugibwa okuvunda okuyingira mu idembe ery'ekitiibwa ky'abaana ba Katonda. 22Kubanga tumaite ng'ebitonde byonabyona bisinda era birumirwa wamu okutuusia atyanu.23Era ti niikyo ekyo kyonka, naye era naife, abalina ebibala ebiberyeberye eby'Omwoyo, era naife tusinda mukati mwaisu, nga tulindirira okufuuka abaana, niikwo kununulibwa kw'omubiri gwaisu. 24Kubanga twalokokere lwo kusuubira: naye ekisuubirwa okiboneka ti kusuubira: kubanga yani asuubira ky'abonaku? 25Naye bwe tusuubira kye tutabonaku, tukirindirira n'okugumiinkirizia.26Era kityo Omwoyo atubbeera obunafu bwaisu: kubanga tetumaite kusaba nga bwe kitugwanira: naye Omwoyo mwene atuwozererya n'okusinda okutatumulikika; 27naye akebera emyoyo amaite okulowooza kw'Omwoyo bwe kuli, kubanga awozererya abatukuvu nga Katonda bw'ataka.28Era tumaite nti eri abo abataka Katonda era abayeteibwe ng'okuteesia kwe bwe kuli, ebintu byonabyona abibakolera wamu olw'obusa. 29Kubanga bwe yamanyire eira, era yabaawiire ira okufaananyizibwa n'engeri y'Omwana we, abbenga omuberyeberye mu b'oluganda abangi: 30era be yayawiire eira, abo era yabetere: era be yayetere, yabawaire abo era obutuukirivu: era be yawaire obutuukirivu, yabawaire abo era ekitiibwa.31Kale twatumula tutya ku ebyo? Katonda bw'abba ku lwaisu, omulabe waisu yaani? 32Ataagaine Mwana we iye, naye n'amuwaayo ku lwaisu feena, era talitugabira bintu byonabyona wamu naye?33Yani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda abawa obutuukirivu: 34yani alibasalira omusango? Kristo Yesu eyafiire, oba okusinga eyazuukiire, ali ku mukono omuliiro ogwa Katonda, era atuwozererya.35Yani alitwawukanya n'okutaka kwa Kristo? kubona naku, oba kulumwa, oba kuyiganyizibwa, oba njala, oba kubba bwereere, oba kabbiibi, oba kitala? 36Nga bwe kyawandiikiibwe nti Twitibwa obwire okuziba, okutulanga iwe: Twabaliibwe ng'entama egy'okusalibwa.37Naye mu ebyo byonabyona tuwangwire n'okusingawo ku bw'oyo eyatutakire. 38Kubanga ntegereire kimu nga waire kufa, waire obulamu, waire bamalayika, waire abafuga, waire ebiriwo, waire ebyaba okubbaawo, waire amaani, 39waire obugulumivu, waire okwaba wansi, waire ekitonde kyonakyona ekindi, tebisobolenga kutwawukanya no kutaka kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waisu.
1Ntumula amazima mu Kristo timbeeya, omwoyo gwange nga guntegezerya mu Mwoyo Omutuukuvu, 2nga nina enaku nyingi n'okulumwa okutamala mu mwoyo gwange.3Kubanga nanditakire nze mwene okukolimirwa Kristo olwa bagande bange, ab'ekika kyange mu mubiri: 4niibo Baisiraeri abaweebwa okufuuka abaana, n'ekitiibwa, n'endagaanu, n'okuteekerwa amateeka, n'okuweerezanga Katonda, n'ebyasuubiziibwe; 5abalina bazeiza abo, era omwaviire Kristo mu mubiri, afuga byonabyona, Katonda atenderezebwa emirembe gyonagyona. Amiina.6Naye ti kubbanga ekigambo kya Katonda kyaviirewo. Kubanga abava mu Isiraeri, ti ba Baisiraeri bonabona: 7so ti kubbanga niilyo eizaire lya Ibulayimu, kyebaviire babba abaana bonabona: naye, mu Isaaka eizaire lyo mwe ryayeterwanga.8Niikwo kukoba nti abaana ab'omubiri, abo ti niibo abaana ba Katonda; naye abaana b'okusuubiza niibo ababalibwa okubba eizaire. 9Kubanga ekigambo kino niikyo eky'okusuubiza, nti Ng'ebiseera ebyo bwe biri ndiiza, no Saala alibba n'omwana.10Naye ti n'ekyo kyonka; era naye no Lebbeeka bwe yabbaire ekida ky'omumu, Isaaka zeiza waisu 11kubanga nga akaali kuzaalibwa, so nga bakaali kukola kisa oba kibbiibi, okuteesia kwa Katonda mu kulonda kaisi kugume, ti lw'ebikolwa, wabula ku bw'oyo ayeta, 12n'akobebwa nti Omukulu alibba mwidu wo mutomuto. 13Nga bwe kyawandiikiibwe no Yakobo n'amutakire, naye Esawu n'amukyawire.14Kale twatumula tutya? Obutali butuukirivu buli eri Katonda? Kitalo. 15Kubanga akoba Musa nti Ndisaasira gwe ndisaasira, gwe ndikwatirwa ekisa gwe ndikwatirwa ekisa. 16Kale kityo ti ky'oyo ataka waire airuka, wabula kya Katonda asaasira.17Kubanga ebyawandiikibwa bikoba Falaawo nti Kyenaviire nkwemererya, kaisi ndage amaani gange mu iwe, era eriina lyange kaisi libuulirwe mu nsi gonagyona. 18Kale kityo asaasira gw'ataka okusaasira, era akakanyalya gw'ataka okukakanyalya.19Kale wankoba nti Kiki ekimunenyesia ate? Kubanga yani aziyiza by'ataka? 20Naye ekisinga, iwe omuntu, niiwe ani awakana no Katonda? Ekibumbe kirikoba eyakibumbire nti Kiki ekyakunkolerye oti? 21Oba omubumbi obula buyinza ku ibbumba, mu kitole kimu okukola ekibya uekimu eky'ekitiibwa, n'ekindi eky'ensoni?22Kiki, oba nga Katonda bwe yatakire okulaga obusungu bwe, n'okumanyisia obuyinza bwe, yagumiinkirizirie n'okulindirira einu ebibya eby'obusungu ebyateekeirweteekeirwe okuzikirira: 23kaisi amanyisie obugaiga obw'ekitiibwa kye ku bibya eby'okusaasirwa, bye yateekeireteekeire eira ekitiibwa, 24niiye ife, n'okweta be yayetere, ti mu Bayudaaya bonka, era naye no mu b'amawanga?25Era nga bw'atumula mu Koseya nti Ndibeeta abantu bange, abatali bantu bange; Era atatakiibwe, atakiibwe. 26Awo mu kifo kye bakobeirwemu nti Imwe timuli bantu bange, Mwe balyeterwa abaana ba Katonda omulamu.27Era Isaaya atumulira waigulu ebya Isiraeri nti Omuwendo gw'abaana ba Isiraeri oba gulibba ng'omusenyu gw'enyanza, ekitundu ekirisigalawo niikyo ekirirokoka: 28kubanga Mukama alikola ekigambo kye ku nsi, ng'akituukirirya era ng'akisalaku. 29Era nga Isaaya bwe yasookere okutumula nti Singa Mukama Ow'eigye teyatulekeirewo eizaire, Twandifuukire nga Sodomu, era twandifaanayiziibwe nga Gomola.30Kale twatumula tutya? Nti ab'amawanga, abatasengereryanga butuukirivu, baatuuka ku butuukivu, niibwo butuukirivu obuva mu kwikiriya; 31naye Isiraeri, mu kusengereryanga amateeka ag'obutuukirivu, teyatuukire ku mateeka gadi.32Lwaki? Kubanga tebabusengereryanga nga beema mu kwikirirya, wabula nga mu bikolwa. Beesittala ku ibbaale eryo eryesitalwaku: 33nga bwe kyawandiikiibwe nti Bona, nteeka mu Sayuuni eibbaale eryesitalwaku n'olwazi olugwisia: Era aikirirya oyo talikwatibwa nsoni.
1Ab'oluganda, kye ntaka mu mwoyo gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe niikyo kino, balokoke. 2Kubanga mbategeezia nga balina okunyiikiririra Katonda, naye ti mu kutegeera. 3Kubanga bwe batamanya butuukirivu bwa Katonda, era bwe bageziaku okutereezia obutuukirivu bwabwe ibo beene, tebasengererya butuukirivu bwa Katonda.4Kubanga Kristo niiye nkomerero y'amateeka olw'okuweesia obutuukirivu buli kwikirirya. 5Kubanga Musa awandiika obutuukirivu obuva mu mateeka nti abukola niiye alibba omulamu mu ibwo.6Naye obutuukirivu obuva mu kwikiriya butumula buti nti Totumulanga mu mwoyo gwo nti Yani aliniina mu igulu? (niikwo kuleeta Kristo wansi;) 7waire nti Yani aliika emagombe? (niikwo kuniinisia Kristo okuva mu bafu.)8Naye butumula butya? Nti, Ekigambo kiri kumpi naiwe, mu munwa gwo, ne mu mwoyo gwo: niikyo ekigambo eky'okwikirirya kye tubuulira: 9kubanga bw'oyatula Yesu nga niiye Mukama n'omunwa gwo, n'oikirirya mu mwoyo gwo nti Katonda yamuzuukizirye mu bafu, olirokoka: 10kubanga omuntu aikirirya no mwoyo okuweebwa obutuukirivu, era ayatula no munwa okulokoka.11Kubanga ebyawandiikiibwa bitumula nti Buli amwikirirya talikwatibwa nsoni. 12Kubanga wabula njawulo y'oMuyudaaya n'oMuyonaani: kubanga omumu niiye Mukama waabwe bonabona, niiye mugaiga eri abo bonabona abamukungirira: 13kubanga, Buli alikungirira eriina lya Mukama alirokoka.14Kale balikungirira batya gwe bakaali kwikirirya? era baliikirirya batya gwe bakaali kuwuliraku? era baliwulira batya awabula abuulira? 15era balibuulira batya nga tebatumiibwe? nga bwe kyawandiikiibwe nti Ebigere byabwe nga bisa inu ababuulira enjiri ey'ebisa!16Naye tebagondeire njiri bonabona. Kubanga Isaaya atumula nti Mukama, yani Eyaikirirye ekigambo kyaisu? 17Kale okwikirirya kuva mu kuwulira, n'okuwulira mu kigambo kya Kristo.18Naye ntumula nti Tebawuliranga? Niiwo awo, dala, Eidoboozi lyabyo lyabunire mu nsi gyonagyona, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero gy'ensi.19Naye ntumula nti Isiraeri tamanyanga? Musa niiye yasookere okutumula nti Ndibakwatisia eyali eri abatali beigwanga, Eri eigwanga eribula magezi ndibasunguwalya.20Era Isaaya aguma inu n'atumula nti Navumbuliibwe abo abatansagiranga, Nalagiibwe eri abo abatambuuliriryangaku. 21Naye eri Isiraeri atumula nti Obwire okuziba nagololeire emikono gyange abantu abatawulira era abagaine.
1Naye eri Isiraeri atumula nti Obwire okuziba nagololera emikono gyange abantu abatawulira era abagaana. 2Katonda teyabbingire bantu be, be yamanyire eira. Oba temumaite ebya Eriya ebyawandiikiibwe bwe kitumula? bwe yasabire Katonda ng'atumula ku Baisiraeri nti 3Mukama, baita banabbi bo, ne basuula ebyoto byo: nzeena nfikirewo nzenka, era basagira obulamu bwange.4Naye okwiramu kwa Katonda kumukoba kutya? Nti Nze neefiikiriiryewo Abasaiza kasanvu, abatafukaamiriranga Baali. 5Kale kityo era ne mu biseera bino waliwo ekitundu ekyafiikirewo mu kulonda okw'ekisa.6Naye oba nga lwe kisa, ti lwe bikolwa ate: oba nga ti kityo, ekisa ti kisa ate. 7Kale tukole tutya? Isiraeri kye yasaagiire, teyaboine; naye abaalondeibwe baakibona, abandi ne bakakanyalibwa: 8nga bwe kyawandiikiibwe nti Katonda yabawaire omwoyo ogw'okuwongera, amaiso ag'obutabona, n'amatu ag'obutawulira, okutuusya ku lunaku lwa atyanu.9Era Dawudi atumula nti Emeeza yaabwe ebafuukire akakunizo n'ekigu, N'enkonge, n'empeera gye bali: 10Amaiso gaabwe gasiikiriziibwe obutabona, Era obakutamyenga omugongo gwabwe buliijo.11Kale ntumula nti Kyebaaviire beesitala kaisi bagwe? Kitalo: naye olw'okwonoona kwabwe obulokozi kyebwaviire bwiza eri ab'amawanga, okubakwatisya eyali. 12Naye oba ng'okwonoona kwabwe niibwo bugaiga bw'ensi, n'okuweebuuka kwabwe bwe bugaiga bw'ab'amawanga; okutuukirira kwabwe tekusinga inu?13Naye mbakoba imwe ab'amawanga. Kale kubanga nze ndi mutume wa b'amawanga, ngulumizia okuweereza kwange: 14bwe ndibona ekigambo kyonakyona kye ndikwatisia eiyali ab'omubiri gwange, ne ndokola abamu mu ibo.15Kuba oba ng'okubbingibwa kwabwe niikwo kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kiki, wabula obulamu mu bafu? 16Era ebibala ebiberyeberye bwe bibba ebitukuvu, era n'ekitole kitukuvu: era ekikolo bwe kibba ekitukuvu, era n'amatabi matukuvu.17Naye oba ng'amatabi agandi gaawogoleibwe, weena, eyabbaire omuzeyituuni ogw'omu nsiko, wasimbiibwe mu igo, n'ogaita wamu nago ekikolo eky'obugeivu obw'omuzeyituuni; 18teweenyumiririzianga ku matabi: naye bwe weenyumirizianga, ti niiwe weetiikire ekikolo, naye ekikolo kye kyetiikire niiwe.19Kale watumula nti Amatabi kyegaava gawogolwa nze nsimbibweku. 20Niiwo awo; gaawogolwa lw'obutaikirirya, weena ogume lwo kwikiriya. Tewegulumizianga, naye tyanga: 21kuba oba nga Katonda teyasaasiire matabi ga buzaaliranwa, era weena talikusaasira.22Kale bona obusa n'obukambwe bwa Katonda: eri abagwire, bukambwe; naye eri iwe busa bwa Katonda, bw'ewabbanga mu busa bwe: bw'otabbenga, weena oliwogolwa.23Era boona, bwe bataabbenga mu butaikirirya bwabwe balisimbwawo: kubanga Katonda asobola okubasimbawo ate. 24Kuba oba nga iwe wawogoleibwe ku muzeyituuni ogwabbaire ogw'omu nsiko mu buzaaliranwa, n'osimbibwa mu muzeyituuni omusa obutasengererya buzaaliranwa, abo, ab'obuzaaliranwa; tebalisinga inu kusimbibwa mu muzeyituuni gwabwe ibo?25Kubanga tintaka imwe, ab'oluganda, obutamanya kyama kino, mulekenga okubba ab'amagezi mu maiso ganyu mwenka, ng'obukakanyali bwabbaire ku Baisiraeri mu kitundu, okutuusya okutuukirira kw'ab'amawanga lwe kulituuka;26era kityo Abaisiraeri bonabona balirokoka: nga bwe kyawandiikiibwe nti Muliva mu Sayuuni Awonya; Alitoolawo obutatya Katonda mu Yakobo: 27Era eno niiyo endagaano yange eri ibo, bwe ndibatoolaku ebibbiibi byabwe.28Mu njiri, niibo abalabe ku lwanyu: naye mu kulondebwa, batakibwa ku lwa bazeiza. 29Kubanga ebirabo n'okweeta kwa Katonda tibyeijusibwa.30Kuba nga imwe eira bwe mutaawuliire Katonda, naye atyanu musaasiirwe olw'obutawulira bw'abo, 31kityo boona atyanu tebawuliire, olw'okusaasirwa kwanyu atyanu boona kaisi basaasirwe. 32Kubanga Katonda yasibire bonabona mu butawulira, kaisi asaasire bonabona.33Obuliba bw'obugaiga obw'amagezi n'obw'okumanya kwa Katonda tomaite bwe buli! emisango gye nga tegikeberekeka, n'amangira ge nga tigekaanyizika! 34Kubanga yani eyabbaire amaite ebirowoozo bya Mukama? oba yani eyabbaire amuwaire amagezi?35oba yani eyabbaire asookere okumuwa ekintu, era aliiriribwa ate? 36Kubanga byonabyona biva gy'ali, era bibita gy'ali, era bituuka gy'ali. Ekitiibwa kibbenga gy'ali emirembe gyonagyona Amiina.
1Kyenviire mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaasira: kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyanyu, Sadaaka enamu, entukuvu, esanyusia Katonda, niikwo kuweereza kwanyu okw'amagezi. 2So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwenga olw'okufuula amagezi ganyu amayaka, Kaisi mukemenga bwe biri Katonda by'ataka, ebisa ebisanyusya, ebituufu.3Kubanga ntumula, olw'ekisa kye naweweibwe, eri buli muntu ali mu imwe, alekenga okwerowooza okusinga bwe kimugwaniire okulowooza; naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabiire buli muntu ekigera ky'okwikirirya.4Kubanga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu naye ebitundu byonabyona tebirina mulimu gumu: 5kityo ife abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli bitundu bya banaisu fenka na fenka.6Era nga bwe tulina ebitekankana ng'ekisa kye twaweweibwe bwe kiri, oba bunabbi (tubuulirenga) mu kigera ky'okwikirirya kwaisu; 7oba kuweereza, tunyiikirenga mu kuweereza kwaisu; 8oba ayegeresya, anyiikirenga mu kwegeresya kwe; oba abuulirira, mu kubuulirira kwe: agaba, agabenga awabula bukuusa; afuga afugenga n'okunyiikira; asaasira asaasirenga n'eisanyu.9Okutaka kubbenga kwa mazima. Mukyawenga obubbiibi, mwegaitenga n'obusa. 10Mu kutaka kw'ab'oluganda mutakaganenga mwenka ne mwenka; mu kitiibwa buli muntu agulumizienga mwinaye;11mu kunyiikira ti bagayaavu; abasanyufu mu mwoyo; nga mubbanga baidu ba Mukama waisu; 12musanyukenga mu kusuubira; mugumiinkirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba; 13mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; musangalirenga abageni.14Musabirenga ababayiganya; musabirenga, so temukolimanga. 15Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; mukungirenga wamu n'abo abakunga. 16Mulowoozenga bumu mwenka na mwenka. Temwegulumizianga, naye mwabenga n'abo ababula bukulu. Temubbanga ba magezi mu maiso ganyu mwenka.17Temuwalananga muntu kibbiibi olw'ekibbiibi. Mwetegekenga ebisa mu maiso g’abantu bonabona. 18Oba nga kisoboka, ku luuyi lwanyu, mutabaganenga n'abantu bonabona.19Temuwalananga mwenka igwanga, abatakibwa, naye wakiri muviirenga obusungu: kubanga kyawandiikiibwe nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'atumula Mukama. 20Naye omulabe wo bw'alumwanga enjala, mulisyenga; bw'alumwanga enyonta, munywesienga kubanga bw'okola otyo, olimukumira amanda g'omusyo ku mutwe gwe. 21Towangulwanga bubbiibi, naye wangulanga obubbiibi olw'obusa.
1Buli muntu awulirenga abakulu abafuga: kubanga wabula bukulu butava eri Katonda; n'abakulu abaliwo baalagirwa Katonda. 2Awakanya obukulu kyava awakanya okulagira kwa Katonda: era abawakana balyereetaku omusango ibo bonka.3Kubanga abafuga ti ba kutiisa mu kikolwa ekisa, wabula mu kibbiibi: Era otaka obutatya bukulu? kola kusa, alikusiima: 4kubanga iye muweereza wa Katonda eri iwe olw'obusa. Naye bw'okola obubbiibi, tya; kubanga takwatira kitala bwereere: kubanga iye muweereza wa Katonda, awalana obusungu ku oyo akola obubbiibi. 5Kyekiviire kibagwanira okuwulira, ti lwo busungu bwonka, naye era ku lw'omwoyo gwanyu.6Era kyemuva muwa omusolo; kubanga niibo baweereza ba Katonda, nga banyiikirira mu mulimu ogwo. 7Musasulenga bonabona amabanja gaabwe: ab'omusolo musolo; ab'empooza mpooza; ab'okutiibwa kutya; ab'ekitiibwa kitiibwa.8Temubbanga n'eibbanja lyonalyona eri omuntu yenayena, wabula okutakagananga: kubanga ataka muntu mwinaye, ng'atuukiriirye amateeka. 9Kubanga kino nti Toyendanga, toitanga, toibbanga, teweegombanga, n'eiteeka erindi lyonalyona, ligaitiibwe mu kino, nti Takanga muntu mwinawo nga bwe wetaka wenka. 10Okutaka tekukola bubbiibi muntu mwinaye: okutaka kyekuva kutuukirirya amateeka.11Era mukolenga mutyo, kubanga mumaite ebiseera, ng'obwire butukire atyanu imwe okuzuuka mu ndoolo: kubanga atyanu obulokozi bwaisu buli kumpi okusinga bwe twaikiriirye. 12Obwire bubitire, obwire buli kumpi okukya: kale twambule ebikolwa eby'endikirirya, era twambale eby'okulwanisia eby'omusana.13Tutambulenga nga tuwoomere nga mu musana, ti mu binyumu no mu mbaga egy'okutamiiranga, ti mu bwenzi n'obukaba, ti mu kutongananga n'eiyali. 14Naye mwambale Mukama waisu Yesu Kristo, so temutegekeranga mubiri, olw'okwegomba.
1Naye atali munywevu mu kwikiriya mumusemberyenga, naye ti lw'okusala musango gwe mpaka. 2Ogondi aikirirya n'ogondi n'alya byonabyona: naye atali munywevu alya iva.3Alya tanyoomanga atalya; era atalya tasaliranga omusango alya: kubanga Katonda yamusembeirye. 4Niiwe ani asalira omusango omuweereza wa beene? eri mukama we yenka ayemerera oba agwa. Naye alyemerera; kubanga Mukama waisu asobola okumwemererya.5Omuntu ogondi alowooza olunaku olumu okusinga olundi, ogondi alowooza enaku gyonagyona okwekankana. Buli muntu ategeererenga dala mu magezi ge yenka. 6Alowooza olunaku, alulowooza ku bwa Mukama waisu: n'oyo alya, alya ku bwa Mukama waisu, kubanga yeebalya Katonda; n'oyo atalya, talya ku bwa Mukama waisu, era yeebalya Katonda.7Kubanga wabula muntu mu ife eyeebbeera omulamu ku bubwe yenka, era wabula eyeefiira ku bubwe yenka. 8Kubanga bwe tubba abalamu, tubba balamu ku bwa Mukama waisu: oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama waisu: kale, bwe tubba abalamu, oba bwe tufa, tubba ba Mukama waisu. 9Kubanga Kristo kyeyaviire afa n'abba omulamu, kaisi abbenga Mukama w'abafu era n'abalamu.10Naye iwe kiki ekikusalisia omusango mugande wo? oba weena kiki ekikunyoomesia mugande wo? kubanga fenafena tulyemerera mu maiso g'entebe ey'emisango eya Katonda. 11Kubanga kyawandiikiibwe nti Nga bwe ndi omulamu, bw'atumula Mukama, buli ikumbo lirinfukaamirira, Na buli lulimi lulyatula Katonda.12Kale kityo buli muntu mu ife alibalirira omuwendo gwe yenka eri Katonda. 13Kale tulekenga okusalira banaisu emisango ate fenka na fenka: naye waakiri musale omusango guno, obutaleeteranga wo luganda ekyesitalya oba enkonge.14Maite era ntegereire dala mu Mukama waisu Yesu, nga wabula kintu kyo muzizo mu buwangwa bwakyo: wabula eri oyo akirowooza nga kyo muzizo, kibba kyo muzizo. 15Kuba oba nga omugande wo anakuwala olw'emere, nga tokaali otambulira mu kutaka. Tomuzikiririanga lw'emere yo oyo Kristo gwe yafiiriire.16Kale ekisa kyanyu kirekenga okuvumibwa: 17kubanga obwakabaka bwa Katonda ti niikwo kulya n'okunywa, wabula butuukirivu n'emirembe n'eisanyu mu Mwoyo Omutukuvu:18Kubanga aweereza Kristo ati asanyusia inu Katonda, n'abantu bamusiima. 19Kale kityo tusengereryenga eby'emirembe, n'eby'okuzimbagananga fenka na fenka.20Toyonoonanga mulimu gwa Katonda lw'emere. Byonabyona bisa; naye kyabbanga kibbiibi eri oyo alya nga yeesitala. 21Kisa obutalyanga nyama waire okunywanga omwenge, waire okukolanga byonabyona ebyesitalya mugande wo oba ebimunyiizia oba ebimunafuya.22Okwikirirya kw'olina, bbanga nakwo wenka mu maiso ga Katonda. Oyo alina omukisa ateesalira musango mu kigambo ky'asiima. 23Naye oyo abuusiabuusia akola omusango bw'alya, kubanga talya mu kwikirirya; na buli ekitava mu kwikirirya, niikyo ekibbiibi
1Era ife abalina amaani kitugwaniire okwetikanga obunafu bw'abo ababula maani, so ti kwesanyusianga fenka. 2Buli muntu mu ife asanyusenga mwinaye mu busa olw'okuzimba.3Kubanga era no Kristo teyeesanyusianga yenka: naye, nga bwe kyawandiikibwe, nti Ebivumi byabwe abakuvumire byagwire ku niinze. 4Kubanga byonabyona ebyawandiikiibwe eira, byawandiikiibwe kutwegeresya ife, kaisi tubbenga n'okusuubira olw'okugumiikiriza n'olw'okusanyusia kw'ebyawandiikiibwe.5Era Katonda w'okugumiikirizia n'okusanyusia abawe imwe okulowoozanga obumu mwenka na mwenka mu ngeri ya Kristo Yesu: 6kaisi muwenga ekitiibwa Katonda, Itaaye wa Mukama waisu Yesu Kristo, n'omwoyo ogumu n'omunwa gumu. 7Kale musembezaganyenga mwenka na mwenka, nga Kristo bwe yabasembezerye imwe, olw'ekitiibwa kya Katonda.8Kubanga ntumula nti Kristo yabbaire muweereza w'abakomole olw'amazima ga Katonda, okunywezia ebyasuubiziibwe eri bazeiza, 9era ab'amawanga kaisi bawenga Katonda ekitiibwa olw'okusaasira; nga bwe kyawandiikiibwe nti Kye naavanga nkwatula mu b'amawanga, Era nayemberanga eriina lyo.10Era ate atumula nti Musanyukenga, imwe ab'amawanga, wamu n'abantu be. 11Era ate nti Mutenderezenga Mukama, imwe ab'amawanga mwenamwena; Era ebika byonabyona bimutenderezenga.12Era ate Isaaya atumula nti Walibba ekikolo kya Yese, Era ayemerera okufuga ab'amawanga; Oyo ab'amawanga gwe balisuubira.13Era Katonda ow'okusuubirwa abaizulye imwe eisanyu lyonalyona n’emirembe olw'okwikirirya, imwe musukirirenga mu kusuubira, mu maani g'Omwoyo Omutukuvu.14Era nzeena nze ntegeereire dala ebyanyu, bagande bange, nga mweena mwizwire obusa, mwizwire okutegeera kwonakwona, nga musobola n'okubuuliriragana mwenka na mwenka.15Naye neeyongeire okuguma katono okubawandiikira, nga kubaijukirya n'olw'ekisa kye naweweibwe Katonda 16nze okubbanga omuweereza wa Kristo Yesu eri ab'amawanga nga nkolera enjiri ya Katonda omulimu gwa kabona, sadaaka y'ab'amawanga kaisi esiimibwe ng'ekuzibwa Omwoyo Omutukuvu.17Kale okwenyumirizia ndi nakwo mu Kristo Yesu mu bya Katonda. 18Kubanga tindyaŋanga kutumula kigambo kyonakyona wabula Kristo bye yankozeserye, olw'okuwulira kw'ab'amawanga, mu kigambo no mu kikolwa, 19mu maani g'obubonero n’eby'amagero, mu maani g'Omwoyo Omutukuvu; kityo okuva mu Yerusaalemi n'okwetooloola okutuuka mu Iruliko, natuukirirya enjiri Kristo;20naye nga ntaka ekitiibwa kino okubuuliranga enjiri, ti awayatulibwa eriina lya Kristo ndekenga okuzimba ku musingi gwa beene; 21naye nga bwe kyawandiikiibwe nti Balibona abatabuulirwanga bigambo bye, Era abataawulira balitegeera.22Era kyenavanga nziyizibwa emirundi emingi okwiza gye muli; 23naye atyanu, kubanga tinkaali nina eibbanga mu nsi gino, era kubanga, okuva mu myaka mingi nabbaire ntaka okwiza gye muli,24we ndyabira mu Esupaniya (kubanga nsuubira okubabona nga mbitayo, imwe mumperekereku okuntuukya eyo, bwe ndimala okubabonaku n'okusanyukiraku awamu naimwe); 25naye atyanu njaba e Yerusalemi, okuweereza abatukuvu.26Kubanga ab'e Makedoni n'ab'e Akaya baasiima okusoloozerya ebintu abaavu ab'omu batukuvu abali Yerusaalemi. 27Kubanga basiima; era nga bababanja. Kuba oba ng'ab'amawanga baikiriryakimu n'ebyabwe eby'omwoyo, babanja okubaweereza ate eby'omubiri.28Kale bwe ndimala ekyo, bwe ndibakwatisirya dala ebibala ebyo ndivaayo, okubita ewanyu okwaba e Supaniya. 29Era maite nga bwe ndiiza gye muli ndiiza mu mukisa gwa Kristo nga gutuukiriire.30Era mbeegayirire, ab'oluganda, ku bwa Mukama waisu Yesu Kristo, n'olw'okutaka kw'Omwoyo, okufubiranga awamu nanze mu kunsabira Katonda; 31kaisi mpone mu abo abatawulira mu Buyudaaya, n'okuweereza kwange kwe ntwala e Yerusaalemi kusiimibwe abatukuvu; 32kaisi ngize gye muli n'eisanyu olw'okutaka kwa Katonda, mpumulire wamu naimwe.33Era Katonda ow'emirembe abbenga naimwe mwenamwena. Amiina.
1Mbanjulira Foyibe mwanyinaife, niiye muweereza w'ekanisa ey'omu Kenkereya: 2kaisi mumwanirizie mu Mukama waisu, nga bwe kigwaniire abatukuvu, era mumuyambe mu kigambo kyonakyona ky'alyetaaga gye muli: kubanga yeena mweene yayambire bangi, era nzeena omweene.3Musugirye Pulisika ne Akula abaakolera awamu nanze mu Kristo Yesu, 4abaawaireyo eikoti lyabwe olw'obulamu bwange; abe nteebalya nze nzenka, era naye n'ekanisa gyonagyona egy'ab'amawanga: 5era musugirye ekanisa ey'omu nyumba yaabwe. Musugirye Epayineeto, gwe ntaka, niikyo kibala eky'oluberyeberye eky'omu Asiya eri Kristo.6Musugirye Malyamu, eyabakoleire imwe emirimu emingi. 7Musugirye Anduloniiko ne Yuniya, ab'ekika kyange, era abaasibiirwe awamu nanze, ab'amaani mu batume, era abansookere okubba mu Kristo. 8Musugirye Ampuliyaato, gwe ntaka mu Mukama waisu.9Musugirye Ulubano, akolera awamu naife mu Kristo, ne Sutaku gwe ntaka. 10Musugirye Apere aikirizibwa mu Kristo. Mubasugirye ab'omu nyumba ya Alisutobulo. 11Musugirye Kerodiyoni, ow'ekika kyange. Mubasugirye ab'omu nyumba ya Nalukiso, abali mu Mukama waisu.12Musugirye Terufayina ne Terufoosa abaakola emirimu mu Mukama waisu. Musugirye Perusi omutakibwa, eyakolere emirimu emingi mu Mukama waisu. 13Musugirye Luufo, eyalondeibwe mu Mukama waisu, no maaye, niiye mawange. 14Musugirye Asunkulito, Fulegoni, Kerume, Patuloba, Keruma, n'ab'oluganda abali wamu nabo.15Musugirye Firologo no Yuliya, Nerewu no mwanyina, n'Olumpa, n'abatukuvu bonabona abali awamu nabo. 16Musugiryagane n'okunywegera okutukuvu. Ekanisa gyonagyona egya Kristo gibasugiirye.17Era mbeegayiriire, ab'oluganda, mulingirirenga abo abaleeta eby'okwawukanya n'eby'okwesitazia, ebitali byo kwegeresya kwe mwayegere: mubakubbenga amugongo abo. 18Kubanga abaliinga abo ti baidu ba Mukama waisu Kristo, naye be bida byabwe bonka; era n'ebigambo ebisa n'eby'okuloogya okusa babbeyabbeya emyoyo gy'abo ababula kabbiibi.19Kubanga okuwulira kwanyu kwatuukire mu bonabona. Kyenviire mbasanyukira imwe: naye ntaka imwe okubbanga abagezi mu busa, era abasirusiru mu bubbiibi. 20Era Katonda ow'emirembe alibetenta Setaani wansi w'ebigere byanyu mangu. Ekisa kya Mukama waisu Yesu Kristo kibbenga naimwe.21Timoseewo, akolera awamu nanze, abasugiirye; no Lukiyo no Yasooni no Sosipateri, ab'ekika kyange. 22Nze Terutiyo, awandikire ebbaluwa eno, mbasugiirye mu Mukama waisu.23Gayo, ansuzia nze n'ekanisa yonayona, abasugiirye. Erasuto, omuwanika w'ekibuga, abasugiirye, no Kwaluto, ow'oluganda. 24Ekisa kya Mukama waisu Kristo Yesu Kibbenga naimwe mwenamwena. Amiina.25Era oyo asobola okubagumya ng'enjiri yange n'okubuulirwa kwa Yesu Kristo bwe biri, ng'ekyama bwe kibikwirwe ekyasirikiirwe okuva mu biseera eby'emirembe n'emirembe, 26naye atyanu kibonekere ne kitegeezebwa amawanga gonagona mu byawandiikibwa bya banabbi, nga bwe yalagiire Katonda atawaawo, olw'okuwulira okuva mu kwikirirya;27Katonda ow'amagezi omumu Yenka aweebwenga ekitiibwa ku bwa Yesu Kristo emirembe egitawaawo.
1Paulo, eyayeteibwe okubba omutume wa Yesu Kristo olw'okutaka kwa Katonda, ne Sossene ow'oluganda, 2eri ekanisa ya Katonda eri mu Kolinso, abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abayeteibwe okubba abatukuvu, wamu ne bonabona abeeta eriina lya Mukama waisu Yesu Kristo mu buli kifo, niiye Mukama waabwe era owaisu: 3ekisa kibbenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Itawaisu, ne Mukama waisu Yesu Kristo.4Neebalya Katonda wange bulijo ku lwanyu, olw'ekisa kya Katonda kye mwaweweirwe mu Kristo Yesu; 5kubanga mu buli kigambo mwagagawaliire mu iye, mu kutumula kwonakwona no mu kutegeera kwonakwona; 6ng'okutegeeza kwa Kristo bwe kwanywezeibwe mu imwe:7imwe obutaweebuuka mu kirabo kyonakyona; nga mulindirira okubikuliwa kwa Mukama waisu Yesu Kristo; 8era alibanyweza okutuusia ku nkomerero, obutabbaku kyo kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waisu Yesu Kristo. 9Katonda mwesigwa, eyabeteire okuyingira mu kwikirirya ekimu kw'Omwana we Yesu Kristo Mukama waisu.10Naye mbeegayirira, ab'oluganda, olw'eriina lya Mukama waisu Yesu Kristo, mwenamwena okutumulanga obumu, so okwawukana kulekenga okubba mu imwe, naye mugaitirwenga dala mu magezi gamu no mu kulowooza kumu. 11Kubanga nabuuliirwe ebifa gye muli, bagande bange, abo ab'omu nyumba yo Kuloowe, ng'eriyo okutongana mu imwe.12Kye kyentumwire niikyo kino nti buli muntu mu imwe atumula nti Nze ndi wa Pawulo; nzeena wa Apolo; nzeena wa Keefa; nzeena wa Kristo: 13Kristo ayawuliibwemu? Pawulo yakomereirwe ku lwanyu? oba mwabatiziibwe okuyingira mu liina lya Pawulo?14Neebalya Katonda kubanga timbatizanga muntu yenayena mu imwe, wabula Kulisupo ne Gaayo; 15omuntu yenayena alekenga okutumula nga mwabatiziibwe okuyingira mu liina lyange: 16Era nabatiza n'enyumba ya Suteefana: ate timaite nga nabatizire ogondi yenayena.17Kubanga Kristo teyantumire kubatiza, wabula okubuulira Enjiri: ti mu magezi ge bigambo, omusalaba gwa Kristo gulekenga okubba ogw'obwereere.18Kubanga ekigambo eky'omusalaba niibwo busirusiru eri abo abagota; naye eri ife abalokokeibwe niigo maani ga Katonda. 19Kubanga kyawandiikibwe nti Ndizikirirya amagezi g'abagezigezi, N'obukabakaba bw'abakabakaba ndibutoolawo.20Omugezigezi aliwaina? omuwaadiiki aliwaina? omuwakani ow'omu nsi muno aliwaina? Katonda teyasiruwazirye magezi ge nsi? 21Kubanga mu magezi ga Katonda ensi olw'amagezi gaayo bw'etaategeera Katonda, Katonda n'asiima olw'obusirusiru obw'okubuulira okwo okulokola abo abaikirirya.22Kubanga Abayudaaya basaba obubonero, n'Abayonaani basagira amagezi: 23naye ife tubuulira Kristo eyakomereirwe, eri Abayudaaya nkonge, n'eri ab'amawanga busirusiru;24naye eri abo abeete Abayudaaya era n'Abayonaani, Kristo maani ga Katonda, era magezi ga Katonda. 25Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga abantu amagezi; n'obunafu bwa Katonda businga abantu amaani.26Kubanga mulingilire okwetebwa kwanyu, ab'oluganda, ng'ab'amagezi ag'omubiri ti bangi abayeteibwe, ab'amaani ti bangi, ab'ekitiibwa ti bangi: 27naye Katonda yalondere ebisirusiru eby'ensi, abagezigezi abakwatisye ensoni; era Katonda yalondere ebinafu eby'ensi, akwatisye ensoni eby'amaani;28n'ebikopi by'ensi n'ebinyoomebwa Katonda yabirondere era n'ebibulawo, atoolewo ebiriwo: 29omubiri gwonagwona gulekenga okwenyumiriza mu maiso ga Katonda.30Naye ku bw'oyo imwe muli mu Kristo Yesu, eyafuukire amagezi gye tuli okuva eri Katonda, era n'obutuukirivu n'okutukuzibwa, n'okununulibwa: 31nga bwe kyawandiikibwe nti Eyenyumirizia, yeenyumiririzienga mu Mukama.
1Nzena, ab'oluganda, bwe naizire gye muli, tinaizire na maani mangi ag'ebigambo oba amagezi nga mbabuulira ekyama kya Katonda, 2Kubanga namaliriire obutamanya kigambo mu imwe, wabula Yesu Kristo era oyo eyakomereirwe.3Nzena nabbanga naimwe mu bunafu ne mu kutya no mu kutengera okungi. 4N'ekigambo kyange n'okubuulira kwange tebyabbanga mu bigambo eby'amagezi ebisendasenda, wabula mu kutegeezia kw'Omwoyo n'amaani: 5okwikirirya kwanyu kulekenga okubba mu magezi g'abantu, wabula mu maani ga Katonda.6Naye amagezi tugatumula mu abo abatuukirira: naye amagezi agatali go mu mirembe gino, era agatali ga bakulu ab'omu mirembe gino, abawaawo: 7naye tutumula amagezi ga Katonda mu kyama, gadi agagisiibwe, Katonda ge yalagiire eira ensi nga gikaali okubbaawo olw'ekitiibwa kyaisu:8abakulu bonabona ab'omu mirembe gino ge batategeeranga n'omumu: kuba singa baagategeire, tebandikomereire Mukama we kitiibwa: 9naye nga bwe kyawandiikibwe nti Eriiso bye litabonangaku, n'ekitu bye kitawuliranga, N'ebitayingiranga mu mwoyo gwo muntu, Byonabyona Katonda bye yategekeire abamutaka.10Naye ife Katonda yabitubikuliire ku bw'Omwoyo: kubanga Omwoyo asagira byonabyona era n'ebitategeerekeka ebya Katonda. 11Kubanga muntu ki ategeera eby'omuntu wabula omwoyo gw'omuntu oguli mu iye? era kityo n'ebya Katonda wabula abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda.12Naye ife tetwaweibwe mwoyo gwe nsi, wabula omwoyo oguva eri Katonda, kaisi tutegeerenga Katonda by'atuwa obuwi. 13N'okutumula tutumula ebyo, ti mu bigambo amagezi g'abantu bye gegeresya, wabula Omwoyo by'ayegeresya; bwe tugeraageranya eby'omwoyo n'eby'omwoyo.14Naye omuntu ow'omwoka obwoka taikirirya byo Mwoyo gwa Katonda: kubanga byo busirusiru gy'ali; era tayinza kubitegeera, kubanga bigisiibwe na mwoyo. 15Naye omuntu ow'omwoyo akebera byonabyona, naye iye mwene takeberwa muntu yenayena. 16Kubanga yani eyabbaire ategeire okulowooza kwa Mukama waisu, kaisi amwegeresye? Naye ife tulina okulowooza kwa Kristo.
1Nzena, ab'oluganda, tinasoboire kutumula naimwe ng'ab'omwoyo, naye ng'ab'omubiri, ng'abaana abawere mu Kristo. 2Nabanyweserye mata, so ti mere; kubanga mwabbaire mukaali kuyingirya: naye era ne atyanu mukaali kuyingirya;3kubanga mukaali bo mubiri: kubanga mu imwe nga bwe mukaali mulimu eiyali n'okutongana, temuli bo mubiri, era temutambula ng'abantu obuntu? 4Kubanga omuntu bw'atumula nti Nze ndi wa Pawulo; n'ogondi nti Nze ndi wa Apolo; nga temuli bantu buntu? 5Kale Apolo niikyo ki? ne Pawulo niikyo ki? Baweereza buweereza ababaikirizisirye; era buli muntu nga Mukama waisu bwe yamuwaire.6Nze nasigire, Apolo n'afukirira; naye Katonda niiye akulya. 7Kale kityo asiga ti kintu, wairee afukirira; wabula Katonda akulya.8Naye asiga n'afukirira bali bumu: naye buli muntu aliweebwa empeera ye iye ng'omulimu gwe iye bwe gulibba. 9Kubanga Katonda tuli bakozi bainaye: muli nimiro ya Katonda, muli nyumba ya Katonda10Ng'ekisa kya Katonda bwe kiri kye naweweibwe, ng'omukolya w'abazimbi ow'amagezi n'asimire omusingi; ogondi n'azimbako. Naye buli muntu yeekuumenga bw'azimbaku. 11Kubanga wabula muntu ayinza kusima musingi ogundi wabula ogwo ogwasimiibwe, niiye Yesu Kristo.12Naye omuntu yenayena bw'azimbanga ku musingi ogwo zaabu, feeza, amabbaale ag'omuwendo omungi, emisaale, eisubi, ebisasiro; 13omulimu gwa buli muntu gulibonesebwa: kubanga olunaku ludi luligubonesya, kubanga gulibikuliwa mu musyo; n'omusyo gwene gulikema omulimu ogwa buli muntu bwe gufaanana.14Omulimu ogwa buli muntu gwe yazimbireku niigwo gulibbaawo, aliweebwa empeera. 15Omulimu ogwa buli muntu bwe gulyokyebwa, alifiirwa; naye iye mwene alirokoka; naye , kubita mu musyo.16Temumaite nga muli yeekaalu ya Katonda, era nga Omwoyo gwa Katonda abba mu niimwe? 17Omuntu yenayena bw'azikiriryanga yeekaalu ya Katonda, Katonda alimuzikirirya oyo; kubanga yeekaalu ya Katonda ntukuvu: niiyo imwe:18Omuntu yenayena teyebbeeyanga; Omuntu yenayena bwe yeerowoozanga okubba omugezi mu imwe mu mirembe gino, afuukenga musirusiru, kaisi afuuke omugezi. 19Kubanga amagezi ag'omu nsi muno niibwo busirusiru eri Katonda. Kubanga kyawandiikibwe nti Akwatisya abagezi enkwe gy'abwe: 20era ate nti Mukama ategeera empaka gy'abagezi nga gibulamu.21Omuntu yenayena kyeyavanga naleka okwenyumirizia mu bantu. Kubanga byonabyona byanyu; 22oba Pawulo, oba Apolo, oba Keefa, oba nsi, oba obulamu, oba okufa, oba ebiriwo, oba ebyaba okubbaawo; byonabyona byanyu; 23mwena muli ba Kristo; ne Kristo wa Katonda.
1Omuntu atulowoozenga ati, nga tuli baweereza ba Kristo era abawanika b'ebyama bya Katonda: 2Era wano kigwanira abawanika, omuntu okubonekanga nga mwesigwa.3Naye ku nze kigambo kitono inu imwe okunsalira omusango, oba omuntu yenayena: era nzena nzenka tinesalira musango: 4Kubanga tinemaiteku kigambo; naye ekyo tekimpeesya butuukirivu: naye ansalira omusango niiye Mukama waisu.5Kale temusalanga musango gwe kigambo kyonakyona, ebiseera nga bikaali kutuuka, okutuusya Mukama waisu lw'aliiza, alimulikya ebigisiibwe eby'omu ndikirirya, era alibonekya okuteesia okw'omu mwoyo; buli muntu kaisi naweebwa eitendo lye eri Katonda.6Naye ebyo, ab'oluganda, mbigereire ku niinze ne Apolo ku lwanyu; kaisi mwegere ku ife obutasukanga ku byawandiikibwa; omuntu yenayena alekenga okwegulumizia olw'omumu okusinga ogondi. 7Kubanga akwawula niiye ani? era olina ki ky'otaaweebwa? naye okuweebwa oba nga waweweibwe, kiki ekikwenyumirizisia ng'ataweweibwe?8Mumalire okwikuta, mumalire okugaigawala, mwafuga nga bakabaka awabula ife: era mubba kufuga nanditakire, era feena kaisi tufugire wamu naimwe. 9Kubanga ndowooza nga Katonda ife abatume yatwoleserye enkomerero ng'abataaleke kufa: kubanga twafuukire ekyebonerwa ensi na bamalayika n'abantu.10Ife tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye imwe muli bagezigezi mu Kristo; ife tuli banafu, naye imwe muli ba maani; imwe muli be kitiibwa, ife tuli bo kunyoomebwa. 11Era n'okutuusia ekiseera kino, tulumwa enjala era n'ennyonta, era tubba bwereere, era tukubbibwa ebikonde, era tubulaku waisu;12era tukola emirimu nga tutegana n'emikono gyaisu: bwe tuvumibwa, tubasabira omukisa; bwe tuyigganyizibwa, tugumiinkiriza; 13bwe tuwaayirizibwa, twegayirira: twafuukiire ng'ebisasiro eby'ensi; empitambiibbi egya byonabyona, okutuusia atyanu.14Ebyo timbiwandiika kubakwatisya nsoni, wabula okubabuulirira ng'abaana bange abatakibwa. 15Kuba waire nga mulina abegeresya mutwalo mu Kristo, naye mubula baitwanyu bangi; kubanga nze nabazaalisirye enjiri mu Kristo Yesu: 16Kyenva mbeegayirira okunsengereryanga:17Kyenva ntuma Timoseewo gye muli niiye mwana wange omutakibwa omwesigwa mu Mukama waisu, alibaijukirya amangira gange agali mu Kristo, nga bwe njegeresya yonayona mu buli kanisa. 18Naye waliwo abandi abeegulumizia nga balowooza nga nze tinjaba kwiza gye muli.19Naye ndiiza gye muli mangu, Mukama waisu bw'alitaka; era ndimanya amaani gaabwe abeegulumizia so ti kigambo kyabwe. 20Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kigambo, wabula mu maani. 21Mutakaku ki? ngize gye muli n'omwigo, oba mu kutaka no mu mwoyo ogw'obuwombeefu?
1N'okukoba bakoba nga mu imwe mulimu obwenzi, era obwenzi butyo obutali no mu b'amawaaga, omuntu okubba no mukali wa itaaye. 2Mwena mwegulumizirye; so temwanakuwaire bunakuwali, oyo eyakolere ekikolwa ekyo kaisi atolebwe wakati mu imwe.3Kubanga nze bwe ntabbaayo mu mubiri naye nga ndiyo mu mwoyo; malire okusalira omusango oyo eyayonoona ekyo atyo, 4mu liina lya Mukama waisu Yesu, imwe nga mukuŋanire n'omwoyo gwange awamu n'amaani ga Mukama waisu Yesu, 5okuwaayo ali atyo eri Setaani omubiri okuzikirizibwa, omwoyo kaisi gweibbe ku lunaku lwa Mukama waisu Yesu.6Okwenyumirizia kwanyu ti kusa: Tetumaite ng'ekizimbulukusya ekitono (ekidiidiri) kizimbulukusya ekitole kyonakyona? 7Mutoolemu Ekizimbulukusya eky'eira, kaisi mubbe ekitole ekiyaaka, nga mubulamu kizimbulukusya. Kubanga era n'Okubitaku kwaisu kwaitiibwe, niiye Kristo: 8kale tufumbe embaga, ti ne kizimbulukusya eky'eira, waire n'ekizimbulukusya eky'eitima n'obubbiibi, wabula n'ebitazimbulukuswa eby'obutali bukuusa n'amazima.9Nabawandiikiire mu bbaluwa yange obuteegaitanga na benzi; 10so ti kwewalira dala abenzi ab'omu nsi muno, oba abeegombi n'abanyagi, oba abasinza ebifaananyi: kubanga bwe kibba kityo kyandibagwaniire okuva mu nsi:11naye atyanu mbawandiikira obuteegaitanga naye, omuntu yenayena ayetebwa ow'oluganda bw'aba nga mwenzi, oba mwegombi, oba asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyagi; ali atyo n'okulya temulyanga naye. 12Kubanga nfaayo ki okusalira omusango abali ewanza? Imwe temusalira musango bo munyumba? 13Naye ab'ewanza Katonda iye abasalira omusango. Omubbiibi einu mumutoole mu imwe.
1Omuntu yenayena ku imwe bw'abba n'ekigambo ku mwinaye, alingiliire okuwozerya ensonga abatali batuukirivu, so ti eri abatukuvu? 2Oba temumaite ng'abatukuvu niibo balisalira ensi omusango? era oba ng'ensi imwe muligisalira omusango, temusaanira kusala nsonga entono (endidiiri) einu. 3Temumaite nga tulisalira bamalayika omusango? tulireka tutya okusala emisango egy'omu bulamu buno?4Kale bwe mubba n'okusala emisango egy'omu bulamu buno, abanyoomebwa mu kanisa abo niibo ba muteekawo? 5Ntumwire kubakwatisya nsoni. Kiri kityo nti mu imwe temusobola kusuuka muntu mugezi, ayinza okusalira bagande ensonga, 6naye ow'oluganda awozie n'ow'oluganda, era ne mu maiso gaabo abatali baikirirya?7Naye era mutyo mumalire okubaaku akabbiibi, kubanga mulina emisango mwenka na mwenka. Lwaki obutamala gakolwanga bubbiibi? lwaki obutamala galyazaamaanyizibwanga? 8Naye imwe abeene mukola bubbiibi, mulyazaamaanya, era n'ab'oluganda.9Oba Temumaite ng'abatali batuukirivu tebalisikira obwakabaka bwa Katonda? Temubbeyebwanga: waire abakaba, waire abasinza ebifaananyi, waire abenzi, waire abafuuka abakali, waire abalya ebisiyaga, 10waire ababbiibi, waire abeegomba, waire abatamiivu, waire abavumi, waire abanyagi, tebalisikira obwakabaka bwa Katonda. 11Era abamu ku imwe Mwabbaire ng'abo: naye mwanaziibwe, naye mwatukuziibwe, naye mwaweweibwe obutuukirivu olw'eriina lya Mukama waisu Yesu Kristo, n'olw'Omwoyo gwa Katonda waisu.12Byonabyona bisa gye ndi; naye byonabyona tebinsaanira. Byonabyona bisa gye ndi; naye nze tinjaba kufugibwanga kyonakyona. 13Eby'okulya bye kida, n'ekida kye byo kulya: naye Katonda alibitoolawo byombiri. Naye omubiri ti gwa bwenzi, naye gwa Mukama waisu; no Mukama waisu avunaana omubiri:14era Katonda yazuukizirye Mukama waisu, era feena alituzuukizia olw'amaani ge. 15Temumaite ng'emibiri gyanyu niibyo ebitundu bya Kristo? kale nkwateenga ebitundutund bya Kristo mbifuule bitundutundu by'omwenzi? Kitalo.16Oba Temumaite ng'eyeegaita n'omwenzi niigwo mubiri gumu? kubanga atumula nti Bombiri babbanga omubiri gumu. 17Naye eyeegaita no Mukama waisu niigwo mwoyo gumu.18Mwewalenga obwenzi. Buli kibbiibi kyonakyona omuntu ky'akola kiri kungulu ku mubiri; naye ayenda akola ekibbiibi ku mubiri gwe iye:19Oba Temumaite ng'omubiri gwanyu niiyo yeekaalu y'Omwoyo Omutukuvu ali mu imwe, gwe mulina eyaviire eri Katonda? mweena temuli ku bwanyu; 20kubanga mwaguliibwe na muwendo: kale mugulumizienga Katonda mu mubiri gwanyu.
1Naye ku ebyo bye mwampandiikiire; kisa omusaiza obutakwatanga ku mukali. 2Naye, olw'obwenzi, buli musaiza abbenga no mukali we iye, na buli mukali abbenga no musaiza we iye.3Omusaiza asasulenga omukali we ekyo ekimugwanira: era n'omukali asasulenga atyo omusaiza. 4Omukali tafuga omubiri gwe iye, wabula musaiza we: era n'omusaiza atyo tafuga omubiri gwe iye, wabula omukali we.5Temwimaŋananga, wabula koizi nga mulagaine ekiseera, kaisi mubbenga n'eibbanga ery'okusabiramu, ate kaisi mubbenga wamu, Setaani alekenga okubakema olw'obuteeziyizia bwanyu. 6Naye ebyo mbitumula nga ngikirirya bwikiriri, so tinteeka iteeka. 7Naye nanditakire abantu bonabona okubbanga nga nze. Naye buli muntu alina ekirabo kye iye, ekiva eri Katonda, ogondi ati, n'ogondi ati.8Naye abatafumbirwagananga na banamwandu mbakoba nti Kisa ibo okubbanga nga nze. 9Naye oba nga tebasobola kweziyizia, bafumbiraganenga: kubanga niikyo ekisa okufumbirwagananga okusinga okwakanga.10Naye abaamalire okufuumbirwagana mbalagira, so ti ninze wabula Mukama waisu, omukali obutanobanga ku musaiza we 11(naye okunoba bw'anobanga, abbeerenga awo obutafumbirwanga, oba atabaganenga no musaiza we); era n'omusaiza obutalekangayo mukali we.12Naye abandi mbakoba nze, ti Mukama waisu: ow'oluganda yenayena bw'abbanga n'omukali ataikirirya, omukali bw'atabagananga naye okubba naye, tamulekangayo. 13N'omukali bw'abbanga n'omusaiza ataikirirya; yeena bw'atabagananga naye okubba naye, tanobanga ku musaiza we. 14Kubanga omusaiza ataikirirya atukuzibwa na mukali, n'omukali ataikirirya atukuzibwa na w'oluganda: singa tekiri kityo, abaana banyu tebandibbaire balongoofu; naye atyanu batukuvu.15Naye ataikirirya bw'ayawukananga, ayawukane: ow'oluganda omusaiza oba omukali tali mu bwidu mu bigambo ebiri bityo: naye Katonda yatweteire mirembe. 16Kubanga, iwe omukali; omaite otya nga tolirokola musaiza wo? oba, iwe omusaiza, omaite otya nga tolirokola mukali wo?17Kino kyonka, buli muntu nga Mukama waisu bwe yamugabiire, buli muntu nga Katonda bwe yamwetere, atambulenga atyo. Era bwe ndagira ntyo mu kanisa gyonagyona. 18Omuntu yenayena yayeteibwe nga mukomole? teyetoolangaku bukomole bwe. Omuntu yenayena yayeteibwe nga ti mukomole? Takomolebwanga. 19Okukomolwa ti kintu n'obutakomolwa ti kintu wabula okukwatanga ebiragiro bya Katonda.20Buli muntu abbenga mu kwetebwa kwe yayeteirwemu. 21Wayeteibwe ng'oli mwidu? tokaali weralkiiriranga: naye okuyinza bw'osobolanga okuweebwa eidembe, wakiri bbanga nalyo. 22Kubanga mu Mukama waisu eyayeteibwe nga mwidu, awebwa Mukama waisu eidembe: atyo eyayeteibwe nga w'eidembe niiye mwidu wa Kristo. 23Mwaguliibwe na muwendo; temufuukanga baidu ba bantu. 24Ab'oluganda, okwetebwa buli muntu niikwo kwe yayeteirwemu, abbenga mu okwo wamu ne Katanda.25Naye ku by'obutafumbiraganwa mbula kiragiro kya Mukama waisu: naye mbakoba nze ng'omuntu Mukama waisu gwe yasaasiire okubbanga omwesigwa. 26Kale ndowooza kino okubba ekisa olw'okubonaabona okwa atyanu, nga kisa omuntu okubba nga bw'ali.27Wasibiibwe n'omukali? tosagiranga kusumululwa. Wasumululwa ku mukali? tosagiranga mukali. 28Naye okukwa bw'okwanga, nga toyonoonere; n'omuwala bw'afumbirwanga, nga tayonoonere. Naye abali batyo babbanga n'okubonaabona mu mubiri: nzena mbasaasira.29Naye kino kye ntumula, ab'oluganda, nti Ebiseera biyimpawaire, Okutandiika atyanu abalina abakali babbe ng'ababula: 30era n'abo abakunga babbe ng'abatakunga; n’abo abasanyuka babbe ng'abatasanyuka; n'abo abagula babbe ng'ababula; 31n'abo abakolya eby'omu nsi babbe ng'abatabikolya bubbiibi: kubanga engeri ey'omu nsi muno ewaawo.32Naye ntaka imwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waisu, bw'ayasanyusianga Mukama waisu: 33naye omufumbo yeeraliikirira byo mu nsi, bweyasanyusanga mukali we. 34Era waliwo enjawulo ku mufumbo n'omuwala. Atafumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waisu, abbenga mutukuvu omubiri n'omwoyo: naye afumbirwa yeeraliikirira byo mu nsi, bweyasanyusanga musaiza we.35Ntumwire ekyo olw'okubagasa imwe beene; ti lwokubba nga kyambika, wabula olw'obusa era kaisi muweerezenga Mukama waisu obutategananga.36Naye omuntu bw'alowoozanga nga takola kusa muwala we, oba nga abitiriire obukulu, era oba nga kigwana okubba kityo, akolenga nga bw'ataka; tayonoona; bafumbirwagane. 37Naye oyo aguma mu mu mwoyo gwe, nga takakibwa, naye ng'asobola okutuukirirya bw'ataka iye, era nga yamaliriire kino mu mwoyo gwe okukuumanga omuwala we, alikola kusa. 38Kale afumbirya omuwala we akola kusa; era n'oyo atalifumbilya iye alisinga okukola okusa.39Omukali asibibwa musaiza we ng'akaali mulamu; naye omusaiza we bw'abba ng'agonere, nga wo bwereere afumbirwenga gw'ataka; kyoka mu Mukama waisu. 40Naye abba musanyufu okusigala nga bw'ali nga nze bwe ndowooza: era ndowooza nga nzeena nina Omwoyo gwa Katonda
1Naye ku ebyo ebiweebwa eri ebifaananyi: tumaite nga tulina fenafena okutegeera. Okutegeera kwegulumizisya, naye okutaka okuzimba. 2Omuntu bw'alowoozanga ng'aliku ky'ategeire, nga akaali kutegeera nga bwe kimugwanira okutegeera; 3naye omuntu bw'ataka Katonda, oyo ategeerwa iye.4Kale ku kulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi, tumaite ng'ekifaananyi ti kintu mu nsi, era nga wabula Katonda ogondi wabula omumu. 5Kuba waire nga waliwo abayeteibwe bakatonda, oba mu igulu, oba mu nsi; nga bwe waliwo bakatonda abangi n'abaami abangi; 6naye gye tuli waliwo Katonda mumu, Itawaisu, omuva byonabyona, feena tuli ku bw'oyo; ne Mukama waisu mumu, Yesu Kristo, abbesyawo byonabyona, era atubbesyawo ife:7Naye okutegeera okwo kubula mu bantu bonabona: naye abandi, kubanga baamanyirira ebifaananyi okutuusia atyanu, balya ng'ekiweweibwe eri ekifaananyi; n'omwoyo gwabwe, kubanga munafu, gubba n'empitambiibbi.8Naye ekyokulya tekitusiimisia eri Katonda: era bwe tutalya tetuweebuuka: era bwe tulya tetweyongeraku. 9Naye mwekuumenga koizi obuyinza bwanyu obwo bulekenga okubba enkonge eri abanafu. 10Kubanga omuntu bw'akubona iwe alina okutegeera ng'otyaime ku mere mu isabo ly'ekifaananyi; omwoyo gw'oyo, bw'abba nga munafu, teguliguma okulya ebiweebwa eri ebifaananyi?11Kubanga omunafu abula olw'okutegeera kw'ow'oluganda Kristo gwe yafiriire. 12Era kityo, bwe mwonoonanga ab'oluganda era ne mufumita omwoyo gwabwe, bwe gubba nga munafu, nga mwonoona Kristo. 13Kale, oba ng'ekyokulya kyesitazia mugande wange, tinalyenga nyama emirembe gyonagyona, ndekenga okwesitazia mugande wange.
1Tindi w'eidembe? tindi mutume? tinaboine Yesu Mukama waisu? imwe temuli mulimu gwange mu Mukama waisu? 2Oba nga tindi mutume eri abandi, naye ndi mutume eri imwe: kubanga imwe niiko akabonero k'obutume bwange mu Mukama waisu.3Bwe mpozia nti eri abo abankemererya. 4Tubula buyinza okulyanga n'okunywanga? 5Tubula buyinza okutwalanga omukali ow'oluganda awamu naife, era ng'abatume abandi, na bagande ba Mukama waisu, no Keefa. 6Oba nze nzenka no Balunabba tubula buyinza obutakolanga mirimu?7Yaani ayaba okutabaala yonayona n'atabaalya ebintu bye iye? yaani asimba olusuku n'atalya ku mere yaamu? oba yani aliisia ekisibo n'atanywa ku mata g'ekisibo ekyo? 8Ebyo ntumula byo buntu? oba era n'amateeka tegatumula gatyo?9Kubanga kyawandiikibwe mu mateeka ga Musa nti Togisibanga omunwa ente ng'ewuula. Katonda alowooza bye nte? 10oba atumula ku lwaisu fenka? Kubanga kyawandiikibwe ku lwaisu: kubanga alima kimugwanira okulima ng'asuubira, era n'awuula kimugwanira okuwuula ng'asuubira okuweebwaku. 11Oba nga ife twabasigiremu eby'omwoyo, kye kitalo ife bwe tulikungula ebyanyu eby'omubiri?12Oba nga abandi balina obuyinza obwo ku imwe, ife tetusinga ibo? Naye tetwakoleserye buyinza obwo; naye tugumiinkiriza byonabyona, tulekenga okuleeta ekiziyizia enjiri ya Kristo. 13Temumaite ng'abo abaweereza ebitukuvu balya ku by'omu yeekaalu, n'abo abaweereza ku kyoto bagabana na kyoto? 14Era ne Mukama waisu atyo yalagiire ababuulira enjiri baliisibwenga olw'enjiri.15Naye nze timbikolyanga ebyo n'ekimu: so tiwandiitire ebyo kaisi kinkolerwenga nze kityo kubanga waakiri nze okufa, okusinga omuntu yenayena okufuula okwenyumirizia kwange okw'obwereere. 16Kubanga bwe mbuulira enjiri, timba ne kyo kwenyumirizia; kubanga nina okuwalirizibwa; kubanga ginsangire, bwe ntabuulira njiri.17Kuba oba nga nkola ntyo n'okutaka, mba n'empeera: naye oba nga tinkola no kutaka, nagisisiibwe obuwanika. 18Kale mpeera ki gye nina? Mbuulira njiri kugifuula y'obwereere, ndeke okukolesya dala obuyinza bwange mu njiri.19Kuba waire nga ndi w'eidembe eri bonabona, neefuula mwidu eri bonabona, kaisi nfunenga abangi. 20N'eri Abayudaaya nafuukire ng'Omuyudaaya, nfunenga Abayudaaya; eri abo abafugibwa amateeka nafuukire ng'afugibwa amateeka, nze mwene nga tinfugibwa mateeka, nfunenga abafugibwa amateeka;21eri ababula mateeka nafuukire ng'abula mateeka, ti butabba na mateeka eri Katonda, naye nga mpulira amateeka eri Kristo, nfunenga ababula mateeka. 22Eri abanafu nafuukire munafu, nfunenga abanafu: eri bonabona nfuukire byonabyona, mu byonabyona kaisi ndokolenga abandi. 23Era nkola byonabyona olw'enjiri, kaisi ngikiriryenga kimu mu iyo.24Temumaite ng'abairuka mu kuwakanya bairukira dala bonabona, naye aweebwaku empeera mumu? Mwirukenga mutyo kaisi muweebwe. 25Era buli muntu awakana yeegenderezia mu byonabyona. Kale ibo bakola batyo kaisi baweebwe engule eryonooneka, naye ife etayonooneka. 26Nze kyenva ngiruka nti, ti ng'atamaite; nwana nti ti ng'akubba eibbanga: 27naye neebonerezia omubiri gwange era ngufuga: koizi nga malire okubuulira abandi, nze nzenka ndeke okubba atasiimibwa
1Kubanga tintaka imwe obutategeera, ab'oluganda, bazeiza baisu bonabona bwe babbaire wansi w'ekireri, era bonabona bwe babitire mu nyanza; 2era bonabona bwe baabatiziibwe eri Musa mu kireri no mu nyanza; 3era bonabona ne balyanga emere imu ey'omwoyo; era bonabona ne banywanga ekyokunywa ekimu eky'omwoyo: 4kubanga baanywanga mu Iwazi olw'omwoyo olwabasengereryanga: n'olwazi olwo lwabbaire Kristo.5Naye bangi ku ibo Katonda teyabasiimire: kubanga baazikiririziibwe mu idungu. 6Naye ebyo byabbaire byokuboneraku gye tuli, tulekenga okwegomba ebibbiibi, era nga ibo bwe beegombere.7So temubbanga basinza be bifaananyi, ng'abamu ku ibo: nga bwe kyawandiikiibwe nti Abantu ne batyama okulya n'okunywa, ne basituka okuzanya. 8Era titwendanga, ng'abamu ku ibo bwe baayendere, ne bagwa ku lunaku olumu emitwaalo ibiri mu enkumi satu.9Era tetukemanga Mukama waisu, ng'abamu ku ibo bwe baakemere, emisota egyo ne gibaita. 10Era temwemulugunyanga, ng'abamu ku ibo bwe beemulugunyire, ne bazikirizibwa omuzikirirya.11Naye ebyo byababbaireku abo okubbanga ebyokuboneraku; era byawandiikiibwe olw'okutulabulanga ife abatuukiibweku enkomerero gy'emirembe. 12Kale alowooza ng'ayemereire yeekuumenga aleke okugwa. 13Wabula kukema okubakwata okutali kwa bantu: naye Katonda mwesigwa, ataabalekenga kukemebwa okusinga bwe musobola; naye awamu n'okukemebwa era yateekangawo n'obwirukiro; kaisi musobolenga okugumiinkiriza.14Kale, bagande bange, mwirukenga okusinza ebifaananyi. 15Mbakoba ng'abalina amagezi; mulowooze kye ntumula. 16Ekikompe eky'omukisa, kye tusabira omukisa, ti niikwo kwikirirya ekimu omusaayi gwa Kristo? Omugaati gwe tumenyaamenya ti niikwo kwikiriya ekimu omubiri gwa Kristo? 17kubanga ife abangi tuli mugaati gumu, omubiri gumu: kubanga fenafena tugabana omugaati gumu.18Mubone Isiraeri ow'omubiri: abalya sadaaka tebaikirirya kimu ne kyoto? 19Kale ntumula ki? ekiweebwa eri ekifaananyi nga kintu, oba ekifaananyi nga kintu?20Naye ntumula ng'ab'amawanga bye bawaayo bawa eri balubaale, so ti eri Katonda: nzeena tintaka imwe kubbanga abaikirirya ekimu na balubaale. 21Temusobola kunywa ku kikompe kya Mukama waisu no ku kikompe kya balubaale: temusobola kugabana ku meeza ya Mukama waisu no ku meeza ya balubaale. 22Oba Mukama waisu tumukwatisia eyali? Ife tumusinga amaani?23Byonabyona bisa; naye ebisaana ti byonabyona. Byonabyona bisa, naye ebizimba ti byonabyona. 24Omuntu yenayena tasagiranga bibye yenka, wabula ebyo mwinaye.25Buli kye batundanga mu katale, mukiryenga, nga temubwirye kigambo olw'omwoyo; 26kubanga ensi ya Mukama waisu n'okwizula kwayo. 27Omumu ku abo abataikirirya bw'abeetanga, mwena bwe mutakanga okwaba; ekiteekebwanga mu maiso ganyu mukiryenga, nga temubwirye kigambo olw'omwoyo.28Naye omuntu bw'abakobanga nti Kino kyaweweibwe okubba sadaaka, temukiryanga ku lw'oyo akobere, n'olw'omwoyo: 29bwe ntumula omwoyo, ti gugwo iwe naye gwa gondi; kubanga eidembe lyange lwaki okusalirwa omusango n'omwoyo gwa gondi? 30Nze bwe ndya n'okwebalya, kiki ekinvumisya olw'ekyo kye neebalya?31Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonakyona, mukolenga byonabyona olw'ekitiibwa kya Katonda. 32Temuleetanga ekyesitalya eri Abayudaaya, waire eri Abayonaani, waire eri ekanisa ya Katonda: 33era nga nzeena bwe ntasagira magoba gange nze, wabula ag'abangi; kaisi balokoke.
1Munsengereryenga nze, nga nzeena bwe nsengererya Kristo. 2Mbatenderezia kubanga mwijukira mu byonabyona, era munywezia bye mwaweweibwe nga bwe nabibawaire. 3Naye ntaka imwe okumanya ng'omutwe gwa buli musaiza niiye Kristo; n'omutwe gw'omukali niiye musaiza; n’omutwe gwa Kristo niiye Katonda. 4Buli musaiza bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga gubikiibweku, aswaza omutwe gwe.5Naye buli mukali bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga tegubikiibweku, aswaza omutwe gwe: kubanga niibwo bumu dala ng'amwereibwe. 6Kuba oba ng'omukali tabikibwaku, era asalibwenga enziiri: naye oba nga kya nsoni omukazi okusalibwanga enziiri oba okumwebwanga, abikibwengaku.7Kubanga omusaiza tekimugwanira kubikibwanga ku mutwe, kubanga oyo niikyo ekifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda: naye omukali niikyo kitiibwa ky'omusaiza. 8Kubanga omusaiza teyaviire mu mukali; wabula omukali niiye yaviire mu musaiza:9era kubanga omusaiza teyatondeibwe lwo mukali; wabula omukali olw'omusajja: 10kyekiva kigwanira omukali okubbangaku akabonero ak'okufugibwa ku mutwe gwe olwa bamalayika.11Era naye omukali tabbaawo awabula musaiza, era omusaiza tabbaawo awabula mukali, mu Mukama waisu. 12Kuba omukali nga bwe yaviire mu musaiza, era n'omusajja atyo azaaliibwa mukali; naye byonabyona biva eri Katonda:13Musale omusango mweena mwenka: kisaana omukali asabenga Katonda nga tabikiibweku? 14Obuzaaliranwa bwonka tebubegeresya nga omusaiza bw'akulya enziiiri gimuswaza? 15Naye omukali bw'akulya enziiri; niikyo ekitiibwa gy'ali: kubanga yaweweibwe enziri gye mu kifo ky'ebivaalo. 16Naye omuntu yenayena bw'abba ng'ataka okuleeta empaka, ife tubula empisa ng'eyo, waire ekanisa gya Katonda.17Naye bwe mbalagira kino timbatenderezia, kubanga temukuŋaana lwo busa wabula olw'obubbiibi. 18Kubanga eky'oluberyeberye, bwe mukuŋaanira mu kanisa, mpulira nga waliwo okwawukana mu imwe; era nkikiririryamu. 19Kubanga era n'okwesalamu kikugwanira okubbangamu imwe, abasiimibwa kaisi babonesebwenga mu imwe.20Kale bwe mukuŋaanira awamu, tekisoboka okulya emere ya Mukama waisu: 21kubanga mu kulya kwanyu buli muntu asooka mwinaye okutoola emere iye yenka; n'ogondi alumwa enjala, n'ogondi atamiira. 22Kiki ekyo? mubula nyumba gyo kuliirangamu n'okunywerangamu? oba munyooma ekanisa ya Katonda, ne muswaza ababula nyumba? Nabakobere ntya? naabatendereza olw'ekyo? Timbatendereza.23Kubanga nze naweweibwe eri Mukama waisu era ekyo kye nabawaire imwe, nga Mukama waisu Yesu mu bwire budi bwe yaliirirwemu olukwe yatoire omugaati; 24ne yeebalya, n'agumenyamu, n'atumula nti Guno niigwo mubiri gwange oguli ku lwanyu: mukolenga mutyo olw'okunjijukiranga nze.25Era n'ekikompe atyo bwe baamalire okulya, ng'atumula nti Ekikompe kino niiyo endagaano enjaaka mu musaayi gwange: mukolenga mutyo buli lwe mwanywangaku, olw'okunjijukiranga nze. 26Kubanga buli lwe mwaalyanga ku mugaati guno no lwe mwaanywanga ku kikompe, mwabonekyanga okufa kwa Mukama waisu okutuusia lw'aliiza.27Kyayaavanga airya omusango ogw'omubiri n'omusaayi gwa Mukama waisu buli eyaalyanga ku mugaati aba eyaanywanga ku kikompe kya Mukama waisu nga tasaanire. 28Naye omuntu yeekeberenga yenka kaisi alyenga ku mugaati atyo, era anywenga no ku kikompe. 29Kubanga alya era anywa, alya era anywa musango gwe iye, bw'atayawula mubiri. 30Mu imwe kyemuviire mubbamu abangi abanafu n'abalwaire, era bangiku abagonere:31Naye singa twesalira omusango fenka, tetwandisaliirwe musango. 32Naye bwe tusalirwa omusango, tubuulirirwa Mukama waisu, tuleke okusingibwa omusango awamu n’ensi.33Kale, bagande bange, bwe mukuŋaananga okulya, mulindaganenga. 34Omuntu bw'alumwanga enjala, alyenga eika; okukuŋaana kwanyu kulekenga okuba okw'ensobi. N'ebindi ndibirongoosya, we ndiziira wonawona.
1Kale, ab'oluganda, eby'ebirabo eby'omwoyo tintaka imwe obutabitegeera. 2Mumaite bwe mwabbaire ab'amawanga nga mwakyamizibwanga eri ebifaananyi ebitatumula, nga mukyamizibwa mu ngeri yonayona. 3Kyenva mbategeeza nga wabula muntu bw'atumula mu Mwoyo gwa Katonda akoba nti Yesu Akolimiirwe; so wabula muntu ayinza okutumula nti Yesu niiye Mukama waisu, wabula mu Mwoyo Omutukuvu.4Naye waliwo enjawulo gy'ebirabo, naye Omwoyo ali mumu. 5Era waliwo enjawulo gy'okuweereza, era Mukama waisu ali mumu. 6Era waliwo enjawulo gy'okukola, naye Katonda ali mumu, akola byonabyona mu bonabona.7Naye buli muntu aweebwa okulagibwa kw'Omwoyo olw'okugasia. 8Kubanga ogondi Omwoyo amuweesia ekigambo eky'amagezi; n'ogondi aweebwa ekigambo eky'okutegeeranga, ku bw'Omwoyo oyo9ogondi okwikirirya, ku bw'Omwoyo oyo; n'ogondi ebirabo eby'okuwonyanga, ku bw'Omwoyo mumu; 10n’ogondi okukolanga eby'amagero; n'ogondi okubuuliranga; n'ogondi okwawulanga emyoyo: ogondi engeri gy'enimi; n'ogondi okuvuunuzanga enimi: 11naye ebyo byonabyona Omwoyo oyo omumu niiye abikola, ng'agabira buli muntu omumu nga iye bw'ataka.12Kuba omubiri nga bwe guli ogumu ne gubba n'ebitundu ebingi n'ebitundu byonabyona eby'omubiri, waire nga bingi, niigwo mubiri ogumu; era ne Kristo atyo. 13Kubanga mu Mwoyo omumu fenafena twabatiziibwe okuyingira mu mubiri gumu, oba Bayudaaya oba Bayonaani, oba baidu oba beidembe; fenafena ne tunywesebwa mu Mwoyo mumu.14Kubanga n'omubiri ti kitundu kimu, naye bingi. 15Ekigere bwe kitumula nti Kubanga tindi mukono, tindi wo ku mubiri; olwekyo tekibba ekitali kyo ku mubiri. 16Era ekitu bwe kitumula nti Kubanga tindi liiso, tindi wo ku mubiri; olwekyo tekibba kitali kyo ku mubiri. 17Omubiri gwonagwona singa liiso, okuwulira kwandibbaire waina? Gwonagwona singa kuwulira, okuwunyirirya kwandibbaire waina?18Naye atyanu Katonda yatekerewo ebitundu buli kimu mu mubiri, nga bwe yatakire. 19Era byonabyona singa kyabbaire kitundu kimu, omubiri gwandibaire waina? 20Naye atyanu ebitundu biri bingi, naye omubiri gumu.21N'eriiso terisobola kukoba mukono nti iwe tinkwetaaga: oba ate omutwe okukoba ebigere nti Imwe timbeetaaga. 22Naye, ekisinga einu, ebitundu bino eby'omubiri ebirowoozebwa okubba ebinafu byetaagibwa: 23n'ebyo eby'oku mubiri bye tulowooza obutabba ne kitiibwa einu, bye tuvaalisia ekitiibwa ekisinga obungi: n'ebitundu byaisu ebitali bisa niibyo bisinga okubba n'obusa; 24naye ebisa byaisu tebyetaaga: naye Katonda yagaitiire dala wamu omubiri, ekitundu ekyabulireku ng'akiwa ekitiibwa ekisinga obusa;25walekenga okubbaawo okwawula mu mubiri; naye ebitundu bibberaganenga bumu byonka na byonka. 26Era ekitundu ekimu bwe kibonaabona, ebitundu byonabyona bibonabonera wamu nakyo; oba ekitundu ekimu bwe kigulumizibwa, ebitundu byonabyona bisanyukira wamu nakyo. 27Naye imwe muli mubiri gwa Kristo, n'ebitundu byagwo, buli muntu.28Era Katonda yatekerewo mu kanisa abandi, okusooka batume, ab'okubiri banabbi, ab'okusatu abegeresya, ate eby'amagero, ate ebirabo eby'okuwonyanga, abayambi, abafuga, abatumuli b'enimi. 29Bonabona batume? bonabona banabbi? bonabona begeresi? bonabona bakola eby'amagero?30bonabona balina ebirabo eby'okuwonyanga? bonabona batumula enimi? bonabona baavuunula? 31Naye mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu. Era mbalaga engira esinga einu obusa.
1Bwe ntumula n'enimi gy'abantu n’egya bamalayika, naye ne ntabba no kutaka, nga nfuukire ekikomo ekivuga n'ebitaasa ebiwaawaala. 2Era bwe mba no bunabbi ne ntegeera ebyama byonabyona n'okutegeera kwonakwona; era bwe mba n'okwikirirya kwonakwona, n'okutoolawo nentoolawo ensozi; naye ne ntabba no kutaka, nga tindi kintu. 3Era bwe ngabira abaavu bye ndina byonabyona okubaliisianga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokyebwa, naye ne ntabba no kutaka, nga mbulaku kye ngasirye.4Okutaka kuguminkiriza, kulina ekisa; okutaka tekubba n'eiyali; okutaka tekwekulumbazya, tekwegulumizya 5tekukola bitasaana, tekusagira byakwo, tekunyiiga, tekusiba obubbiibi ku mwoyo; 6tekusanyukira bitali byo butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima; 7kuguminkiriza byonabyona, kwikirirya byonabyona, kusuubira byonabyona, kuzibiinkiriza byonabyona.8Okutaka tekuwaawo emirembe gyonagyona: naye oba bunabbi, bulivaawo; oba nimi, girikoma; oba kutegeera, kulivaawo. 9Kubanga tutegeeraku kitundu, era tulagulaku kitundu: 10naye ebituukirivu bwe biriiza, eby'ekitundu birivaawo.11Bwe nabbaire omutomuto, natumulanga ng'omutomuto, nategeeranga ng'omutomuto, nalowoozanga ng'omutomuto: bwe nakulire, ne ndeka eby'obutobuto. 12Kubanga atyanu tubonera mu ndabirwamu ebitaboneka okusa; naye mu biseera bidi tulibonagagana n'amaiso: atyanu ntegeeraku kitundu; naye mu biseera bidi nditegeerera dala era nga bwe nategeereirwe dala. 13Naye atyanu waliwo okwikirirya, okusuubira, okutaka, ebyo byonsatu; naye ku ebyo ekisinga obukulu kutaka.
1Musereryenga okutaka; naye mwegombenga ebirabo eby'omwoyo, naye ekisinga mubuulirenga. 2Kubanga atumula olulimi tatumula eri bantu, wabula Katonda; kubanga wabula awulira; naye mu mwoyo atumula byama. 3Naye abuulira atumula eri abantu ebizimba, n'ebisanyusya, n'ebigumya. 4Atumula olulimi yeezimba yenka; naye abuulira azimba ekanisa.5Kale mbataka mwenamwena mutumulenga enimi, naye wakiri mubuulirenga: era abuulira niiye asinga obukulu atumula enimi, wabula ng'ategeezia, ekanisa kaisi ezimbibwe. 6Naye atyanu, ab'oluganda, oba nga ndiiza gye muli nga ntumula enimi, ndibagasia ntya; bwe ntalitumula naimwe oba mu kubikula, oba mu kutegeera, oba mu kubuulira, oba mu kwegeresya?7Era n'ebitali biramu, ebireeta, eidoboozi; oba ndere, oba nanga, bwe bitaleeta kwawula mu kuvuga, kitegeerwa kitya ekifuuwibwa oba ekikubbibwa? 8Kubanga n'akagombe bwe kavuga eidoboozi eritategeerekeka, yani alyeteekateeka okulwana? 9Mutyo mweena bwe mutaaleetenga mu lulimi eidoboozi eriwulikika amangu, eritumulibwa kyategeerwanga kitya? kubanga mulitumulira mu ibbanga.10Koizi waliwo mu nsi engeri gy'enimi giti, so wabula ngeri ebula makulu. 11Kale bwe ntamanya makulu g'eidoboozi, ndibba ng'ajoboja eri oyo atumula, n'oyo atumula alibba ng'ajoboja eri nze.12Mutyo mwena, kubanga mwegomba eby'omwoyo, mutakenga okweyongera olw'okuzimba ekanisa. 13Kale atumula olulimi asabenga ategeezienga. 14Kubanga bwe nsaba mu lulimi, omwoyo gwange gusaba, naye amagezi gange tegabala bibala.15Kale kiki? naasabyanga omwoyo, era naasabyanga n'amagezi, nayembyanga mwoyo, era nayembyanga n'amagezi. 16Kubanga bw'osaba omukisa mu mwoyo, abba mu kifo ky'oyo atamaite yairangamu atya nti Amiina olw'okwebalya kwo, bw'atategeera ky'otumwire?17Kubanga iwe weebalya kusa, naye ogondi tazimbibwa. 18Nebalya Katonda, mbasinga mwenamwena okutumula enimi; 19naye mu kanisa ntaka okutumulanga ebigambo bitaanu n'amagezi gange, kaisi njegeresyenga n'abandi, okusinga ebigambo mutwalo gumu mu lulimi obulimi.20Ab'oluganda, temubanga baana batobato mu magezi: naye mu itima mubbenga baana bawere, naye mu magezi mubbenga bakulu. 21Kyawandiikibwe mu mateeka nti Nditumula n'abantu bano mu bantu ab'enimi egindi no mu mimwa gya banaigwanga; era waire kityo tebalimpulira, bw'atumula Mukama.22Enimi kyegiva gibba akabonero, ti eri abo abaikirirya, wabula eri abataikirirya: naye okubuulira tekubba kabonero eri abataikirirya wabula eri abaikirirya. 23Kale ekanisa yonayona bw'eba ng'ekuŋaanire wamu, bonabona ne batumula enimi, ne wayingira abatamaite oba abataikirirya, tebalikoba nti mulalukire?24Naye bonabona bwe babuuliira, ne wayingira ataikirirya oba atamaite, anenyezebwa bonabona, asalirwa bonabona omusango; 25ebyama eby'omu mwoyo gwe bibonesebwa; era atyo alivuunama amaiso, n'asinza Katonda, ng'atumula nga Katonda ali mu imwe dala.26Kale kiri kitya, ab'oluganda? Bwe mukuŋaana, buli muntu alina olwembo, alina okwegeresya, alina ekimubikuliwe, alina olulimi, alina okutegeeza. Byonabyona bikolebwenga olw'okuzimba. 27Omuntu bw'atumulanga olulimi, batumulenga babiri oba nga bangi, basatu, era mu buwu, era omumu avuunulenga: 28naye oba nga wabula avuunula, asirikenga mu kanisa; atumulenga mu meeme ye era ne Katonda.29Ne banabbi batumulenga babiri oba basatu, n'abandi baawulilenga. 30Naye ogondi atyaime bw'abikuliwanga, esokere asirikenga.31Kubanga mwenamwena musobola okubuuliranga mumu, bonabona bayegenga, era bonabona basanyusibwenga; 32n'emyoyo gya banabbi gifugibwa banabbi; 33kubanga Katonda ti wo kuyoogaana, naye we mirembe; nga mu kanisa gyonagyona egy'abatukuvu.34Abakali basirikenga mu kanisa: kubanga tebalagiirwe kutumula; naye bafugibwenga, era nga n'amateeka bwe gatumula. 35Era bwe batakanga okwega ekigambo, babuulilyenga baibawabwe eika: kubanga kye nsoni omukali okutumulanga mu kanisa. 36Oba gye muli ekigambo kya Katonda gye kyaviire? oba kyatuukire eri imwe mwenka?37Omuntu yenayena bwe yeerowoozanga okubba nabbi oba wo mwoyo, ategeerenga bye mbawandiikira, nga niikyo ekiragiro kya Mukama waisu. 38Naye omuntu yenayena bw'atategeera, aleke okutegeera.39Kale bagande bange, mwegombenga okubuuliranga, so temwegeresyanga kutumulanga enimi. 40Naye byonabyona bikolebwenga nga bwe kisaana era mu mpisa ensa.
1Kale mbategeezia, ab'oluganda, enjiri gye nababuuliire, era gye mwaweweibwe, era gye munywereramu, 2era gye mulokokeramu; mbategeezia ebigambo bye nagibuuliriiremu, oba nga muginyweza, wabula nga mwaikiriirye bwereere.3Kubanga nasookere okubawa imwe era kye naweeweibwe, nga Kristo yafiriire olw'ebibbiibi byaisu ng'ebyawandiikiibwe bwe bitumula; 4era nga yaziikiibwe; era nga yazuukiziibwe ku lunaku olw'okusatu ng'ebyawandiikibwa bwe bitumula;5era nga yabonekeire Keefa; kaisi n'abonekera eikumi n'ababiri; 6kaisi n'abonekera ab'oluganda abasingawo ebitaano omulundi gumu, ku abo bangi abakaali abalamu okutuusia atyanu, naye abandi bagonere; 7kaisi n'abonekera Yakobo; kaisi n'abonekera abatume bonabona;8era oluvannyuma lwa bonabona n'abonekera nzeena ng'omwana omusowole. 9Kubanga nze ndi mutomuto mu batume, atasaanira kwetebwa mutume, kubanga nayiganyanga ekanisa ya Katonda.10Naye olw'ekisa kya Katonda bwe ndi bwe ndi; n'ekisa kye ekyabbaire gye ndi tekyabbaire kyo bwereere; naye nakolere emirimu mingi okusinga bonabona: naye ti niinze, wabula ekisa kya Katonda ekyabbaire nanze. 11Kale oba nze oba ibo, tutyo bwe tubuulira, era mutyo bwe mwaikiriirye.12Naye Kristo bw'abuulirwa nga yazuukiziibwe mu bafu, abamu mu imwe batumula batya nga wabula kuzuukira kwa bafu? 13Naye oba nga wabula kuzuukira kwa bafu, era ne Kristo teyazuukiziibwe; 14era oba nga Kristo teyazuukiziibwe, kale okubuulira kwaisu kubulamu, so n'okwikirirya kwanyu kubulamu.15Era naye tuboneka ng'abajulizi ab'obubbeyi aba Katonda; kubanga twategeezerye Katonda nga yazuukizirye Kristo: gw'ataazuukizirye, oba ng'abafu tebazuukiziibwe. 16Kuba oba ng'abafu tebazuukiziibwe, era ne Kristo teyazuukiziibwe: 17era oba nga Kristo teyazuukiziibwe, okwikirirya kwanyu kubulaku kye kugasa; mukaali mu bibbiibi byanyu.18Kale era n'abo abagonere mu Kristo baabula. 19Oba nga mu bulamu buno bwonka mwe tubbeereire n’eisuubi mu Kristo, tuli bo kusaasirwa okusinga abantu bonabona.20Naye atyanu Kristo yazuukiziibwe mu bafu, niigwo mwaka omuberyeberye ogw'abo abagonere. 21Kubanga okufa bwe kwabbairewo ku bw'omuntu, era n’okuzuukira kw'abafu kwabbairewo ku bwo muntu.22Kuba bonabona nga bwe baafiirire mu Adamu, era batyo mu Kristo bonabona mwe balifuukira abalamu. 23Naye buli muntu mu kifo kye iye: Kristo niigwo mwaka omuberyeberye; oluvanyuma aba Kristo mu kwiza kwe.24Enkomerero kaisi n'etuuka bw'aliwaayo obwakabaka eri Katonda niiye Itaaye; bw'alibba ng'amalire okutoolawo okufuga kwonakwona n'amaani gonagona n'obuyinza. 25Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusia lw'aliteeka abalabe be bonabona wansi w'ebigere bye. 26Omulabe ow'enkomerero alitoolebwawo, niikwo kufa.27Kubanga kyawandiikiibwe nti Yatekere byonabyona wansi w'ebigere bye. Naye bw'atumula nti Byonabyona byatekeibwe wansi, kitegeerekeka ng'oyo teyatekeibwe wansi eyateekere byonabyona wansi we. 28Naye byonabyona bwe birimala okuteekebwa wansi we, era n'Omwana mweene kaisi nateekebwa wansi w'oyo eyateekere byonabyona wansi we, Katonda Kaisi abbenga byonabyona mu byonabyona.29Kubanga balikola batya ababatiziibwe ku lw'abafu? oba ng'abafu tebazuukiziibwe dala, kiki ekibabatizisya ku lw'abo? 30Feena lwaki okubba mu kabbiibi buli kaseera?31Nfa buliijo, ndayire okwenyumirizia okwo ku lwanyu, kwe ndi nakwo mu Kristo Yesu Mukama waisu. 32Oba nga nalwaine n'ensolo mu Efeso ng'omuntu obuntu, ngasibwa ntya? Oba ng'abafu tebazuukiziibwe, tulye tunywe, kubanga tufa eizo.33Temubbeyebwanga: Okukwana n'ababiibi kwonoona empisa ensa. 34Mutamiirukukenga mu butuukirivu, so temwonoonanga; kubanga abandi tebategeera Katonda: ntumwire kubakwatisya nsoni.35Naye omuntu alitumula nti Abafu bazuukiziibwe batya? era mubiri ki gwe baizire nagwo? 36Musirusiru iwe, gy'osiga tebba namu wabula ng'efa:37ne gy'osiga, tosiga mubiri ogulibba, wabula mpeke njereere, koizi ye ŋaanu, oba ye ngeri gendi; 38naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ataka, era buli nsigo agiwa omubiri gwayo yonka. 39Enyama yonayona ti nyama imu: naye egendi ya bantu, n'egendi ye nsolo, n'egendi ye nyonyi, n'egendi ye byenyanza.40Era waliwo emibiri egy'omu igulu n'emibiri egy'omu nsi: naye ekitiibwa eky'egy'omu igulu kindi, n'eky'egy'omu nsi kindi. 41Ekitiibwa ky'eisana kindi, n'ekitiibwa ky'omwezi kindi, n'ekitiibwa ky'emunyenye kindi: kubanga emunyenye teyekankana ginaye kitiibwa.42Era n'okuzuukira kw'abafu kutyo. Gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda: 43gusigibwa awabula kitiibwa; guzuukizibwa mu kitiibwa; gusigibwa mu bunafu; guzuukizibwa mu maani: 44gusigibwa nga mubiri gw'omwoka; guzuukizibwa mubiri gw'omwoyo. Oba nga waliwo omubiri gw'omwoka, era waliwo n'ogw'omwoyo45Era kityo kyawandiikibwe nti Omuntu ow'oluberyeberye Adamu yafuukire mwoka mulamu. Adamu ow'oluvanyuma yafuukire mwoyo oguleeta obulamu. 46Naye eky'omwoyo tekisooka, wabula eky'omwoka; oluvannyuma kyo mwoyo.47Omuntu ow'oluberyeberye yaviire mu nsi, w'eitakali: omuntu ow'okubiri yaviire mu igulu. 48Ng'odi ow'eitakali bwe yabbaire, era n'ab'eitakali bali batyo: era ng'odi ow'omu igulu bw'ali; era n'ab'omu igulu bali batyo. 49Era nga bwe twatwaire ekifaananyi ky'odi ow'eitakali, era tulitwala n'ekifaananyi ky'odi ow'omu igulu.50Naye kino kye ntumula, ab'oluganda, ng'omubiri n'omusaayi tebisobola kusikira bwakabaka bwa Katonda so okuvunda tekusikira obutavunda. 51Bona, mbabuulira ekyama: tetuligona feena, naye feena tulifuusibwa,52mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda, feena tulifuusibwa. 53Kubanga oguvunda guno, kigugwanira okuvaala obutavunda, n'ogufa guno okuvaala obutafa.54Naye oguvunda guno bwe gulibba nga gumalire okuvaala obutavunda, n'ogufa guno okuvaala obutafa, ekigambo ekyawandiikiibwe kaisi ne kituukirira nti Okufa kumiriibwe mu kuwangula. 55Iwe okufa, okuwangula kwo kuli waina? Iwe okufa, okuluma kwo kuli waina?56Okuluma kw'okufa niikyo kibbiibi; n'amaani g'ekibbiibi niigo mateeka: 57naye Katonda yeebazibwe, atuwangulya ife ku bwa Mukama waisu Yesu Kristo.58Kale, bagande bange abatakibwa, mugumirenga obutasagaasagana, nga mweyongeranga buliijo mu mulimu gwa Mukama waisu, kubanga mumaite ng'okufuba kwanyu ti kwo bwereere mu Mukama waisu.
1Naye okukuŋaaniryanga ebintu abatukuvu, nga bwe nalagiire ekanisa egy'e Galatiya, mweena mukolenga mutyo. 2Ku lunaku olw'oluberyeberye mu sabbiiti buli muntu mu imwe agisenga ewuwe nga bw'ayambiibwe, ebintu bireke okukuŋaanyizibwa lwe ndiiza.3Era bwe ndituuka be mulisiima mu bbaluwa abo be ndituma okutwala ekisa kyanyu mu Yerusaalemi: 4era oba nga kirinsaanira nzeena okwaba, balyaba nanze.5Naye ndiiza gye muli bwe ndibba nga malire okubita mu Makedoni; kubanga ndibita mu Makedoni: 6naye koizi ndityama gye muli katono (kadiidiri), oba n'okumala ndimalayo ebiseera bya maizi byonka, imwe kaisi munsibirire gye ndyaba yonayona.7Kubanga tintaka kubabona katono (kadiidiri) nga mbita bubiti: kubanga nsuubira okulwayo katono (kadiidiri)gye muli, Mukama waisu bw'alikirirya. 8Naye ndirwayo mu Efeso okutuusia ku Pentekoote; 9kubanga olwigi olunene era olw'emirimu emingi lungiguliirwewo, era abalabe bangi.10Naye oba nga Timoseewo aliiza, mubone aibbenga gye muli awabula kutya; kubanga akola omulimu gwa Mukama waisu era nga nze: 11kale omuntu yenayena tamunyoomanga. Naye mumusibirire n'emirembe, aize gye ndi: kubanga nsuubira okumubona awamu n'ab'oluganda. 12Naye ebya Apolo ow'oluganda, namwegayiriire inu okwiza gye muli awamu n'ab'oluganda: n'atatakira dala kwiza mu kiseera kino; naye aliiza bw'alifuna eibbanga.13Mumogenga, mugumenga mu kwikiriya, mubbenga basaiza, mubbenga ba maani. 14Byonabyona bye mukola bikolebwenga mu kutaka.15Naye mbeegayirira, ab'oluganda (mumaite enyumba ya Suteefana, nga niigwo mwaka omuberyeberye ogw'omu Akaya, era nga beeteekereteekere okuweereza abatukuvu), 16mweena muwulirenga abali ng'abo, na buli muntu akolera awamu naife afuba.17Era nsanyukira okwiza kwa Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko: kubanga ebyagotere ku lwanyu baabituukirirya. 18Kubanga baawumwirye omwoyo gwange n'ogwanyu: kale mwikiriryenga abali ng'abo.19Ekanisa egy'omu Asiya gibasugirye. Akula ne Pulisika babasugiirye inu mu Mukama waisu; n'ekanisa eri mu nyumba yaabwe. 20Ab'oluganda bonabona babasugiirye. Musugiryagane n'okunywegera okutukuvu.21Kuno niikwo kusugirya kwange Pawulo n'omukono gwange. 22Omuntu yenayena bw'atatakanga Mukama waisu, akolimirwenga. Mukama waisu aiza. 23Ekisa kya Mukama waisu Yesu Kristo kibbenga naimwe. 24Okutaka kwange kubbenga naimwe mwenamwena mu Kristo Yesu. Amiina.
1Paulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okutaka kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda, eri ekanisa ya Katonda eri mu Kolinso, awamu n'abatukuvu bonabona abali mu Akaya yonayona: 2ekisa kibbenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Itawaisu n'oMukama waisu Yesu Kristo.3Yeebazibwe Katonda era Itaaye wa Mukama waisu Yesu Kristo, Itawaisu ow'okusaasira era Katonda ow'okusanyusia kwonakwona; 4atusanyusia mu buli kibonyoobonyo kyaisu, ife kaisi tusobolenga okusanyusianga abali mu kubonaabona kwonakwona, n'okusanyusya ife kwe tusanyusibwa Katonda.5Kuba ebibonyoobonyo bya Kristo nga bwe byeyongera einu gye tuli, era kutyo n'okusanyusibwa kwaisu kweyongera inu ku bwa Kristo. 6Naye bwe tubonaabona, tubonaabona olw'okusanyusibwa n'okulokoka kwanyu; era bwe tusanyusibwa, tusanyusibwa olw'okusanyusibwa kwanyu, okuleeta okugumiinkiriza ebibonyoobonyo ebyo feena bye tubonyaabonyezebwa: 7era okusuubira kwaisu kunywera eri imwe; nga tumaite nti nga bwe mwikirirya ekimu mu bibonyoobonyo, era mutyo mwikirirye kimu no mu kusanyusibwa.8Kubanga tetutaka imwe obutategeera, ab'oluganda eby'okubonaabona kwaisu okwatubbaireku mu Asiya, bwe twazitoowereirwe einu dala okusinga amaani gaisu, era n'okusuubira ne tutasuubira okubba balamu: 9era ife beene twabbairemu okwiramu okw'okufa mukati mu ife, tuleke obwesige okubuteeka mu ife fenka, wabula Katonda azikizya abafu: 10eyatuwonyerye mu kufa okunene okwekankana awo, era yatuwonyanga: era gwe tusuubira eira alituwonya;11era imwe bwe mubba awamu ku lwaisu mu kusaba; bwe tulimala okuweebwa ekirabo olw'abantu abangi, abangi kaisi beebalye ku lwaisu12Kubanga okwenyumirizia kwaisu niikwo kuno, okutegeeza okw'omwoyo gwaisu, nga mu butukuvu ne mu mazima ga Katonda, ti mu magezi ag'omubiri wabula mu kisa kya Katonda, bwe twatambulanga mu nsi era okusinga einu eri imwe. 13Kubanga tetubawandiikira bindi wabula ebyo bye musomere era n'okwatula bye mwatula, era nsuubira nga mwabyatulanga okutuusia enkomerero: 14nga n'okwatula bwe mwatwatwiireku akatono, nti ife tuli kwenyumirizia kwanyu, era nga mwena bwe muli gye tuli, ku lunaku lwa Mukama waisu Yesu.15Ne mu kusuubira kuno nabbaire ntaka okwiza gye muli eira, kaisi muweebwe ekisa olw'okubiri; 16n'okubita gye muli okwaba e Makedoni, n'okuva ate e Makedoni okwiiza gye muli, n'okusibirirwa imwe okwaaba e Buyudaaya.17Kale bwe nabbaire ntaka ntyo, nalagaalaganire? oba bye nteesia, mbiteesia kusengererya mubiri, nze okubba n'ebyo nti niiwo awo, ate nti ti niiwo awo, ti niiwo awo? 18Naye nga Katonda bw'ali omwesigwa, ekigambo kyaisu ekiri eri imwe ti kiti nti niiwo awo ate nti ti niiwo awo.19Kubanga Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, ife gwe twababuuliire mu imwe, nze ne Sirwano ne Timoseewo, teyabbaire nti niiwo awo ate nti ti niiwo awo, naye mu iye niimwo muli niiwo awo. 20Kubanga mu byonabyona Katonda bye yasuubizirye, mu oyo niimwo muli niiwo awo: era oyo kyava aleeta Amiina, Katonda atenderezebwe ku bwaisu.21Naye atunywezia ife awamu naimwe mu Kristo, era eyatufukire amafuta, niiye Katonda; 22era eyatuteekereku akabonero, n'atuwa omusingo ogw'Omwoyo mu mwoyo gyaisu.23Naye nze njeta Katonda okubba omujulizi w'emeeme yange, nga Kyenaviire ndeka okwiza mu Kolinso, kubanga nabasaasiire. 24Ti kubbanga tufuga okwikirirya kwanyu, naye tuli bakozi banaanyu ab'eisanyu lyanyu: kubanga okwikirirya niikwo kubemereirye.
1Naye kino nakimaliriire mu mwoyo gwange, obutaiza ate ne naku gye muli. 2Kubanga nze bwe mbanakuwalya, kale ansanyusia niiye ani wabula oyo nze gwe nakuwalya?3N'ekyo nakiwandiikire bwe ndiiza abo baleke okunakuwalya abagwanira okunsanyusia; kubanga neesiga imwe mwenamwena, ng'eisanyu lyange niilyo elyanyu mwenamwena. 4Kubanga mu kubonaabona okungi n'okulumwa omwoyo nabawandiikiire n'amaliga mangi, si lwo ku banakuwalya, naye mutegeere okutaka kwe ndina eri imwe bwe kuli okungi einu:5Naye omuntu bw'abba anakuwairye, aba tanakuwairye niinze, wabula imwe mwenamwena, so ti mwenamwena, ndeke okuzitowa einu. 6Kuna gondi ali atyo okubonerezebwa okwo okw'abangi; 7kyekiviire kibagwanira imwe okumusonyiwa obusonyiwi n'okumusanyusia, afaanana atyo koizi aleke okumiribwa enaku gye nga giyingire obungi.8Kyenva mbeegayirira okunywezia okutaka eri oyo. 9Kubanga era Kyenaviire mpandiika; kaisi ntegeere okukemebwa kwanyu, oba nga muwulira mu bigambo byonabyona.10Naye gwe musonyiwa ekigambo, nzeena musonyiwa: kubanga nzeena kye nsonyiwire, oba nga nsonyiwire, nkisonyiwire ku lwanyu mu maiso ga Kristo; 11Setaani alekenga kutwekudumbaliryaku: kubanga tetuli ng'abatategeera nkwe gye.12Naye bwe naiza mu Tulowa olw'enjiri ya Kristo, era olwigi bwe lwangiguliirwewo mu Mukama waisu, 13tintaka kuwumula mu mwoyo gwange, olw'obutasanga Tito mugande wange: naye ne mbasiibula ne njaba mu Makedoni.14Naye Katonda yeebazibwe, atutwala buliijo ng'abawangula mu Kristo, n'atubiikulya eivumbe ery'okumutegeera iye mu buli kifo. 15Kubanga tuli ivumbe eisa erya Kristo eri Katonda mu abo abalokoka ne mu ibo abagota;16eri abo abagota tuli ivumbe eriva mu kufa erireeta okufa; naye eri badi tuli ivumbe eriva mu bulamu erireeta obulamu. Era ebyo yaani abisobola? 17Kubanga tetuli nga badi abasinga obusa, abatabanguli b'ekigambo kya Katonda; naye olw'amazima, naye olwa Katonda, mu maiso ga Katonda, tutyo bwe tutumula mu Kristo.
1Tutanula ate okwetendereza fenka? oba twetaaga ebbaluwa, ng'abandi, egy'okutendereza eri imwe, oba egiva gye muli? 2Imwe muli bbaluwa yaisu, ewandiikiibwe mu myoyo gyaisu abantu bonabona gye bategeera, gye basoma; 3nga mubonesebwa okubba ebbaluwa ya Kristo, ife gye twamuweererezeiryemu, eyawandiikiibwe no bwino, wabula Omwoyo gwa Katonda omulamu; ti ku bipande eby'amabbaale, wabula ku bipande niigyo emyoyo egy'omubiri.4Era tutyo bwe twesiga Katonda ku bwa Kristo: 5ti kubanga fenka tulina obuyinza, okulowooza ekigambo kyonakyona nga ekiva gye tuli; naye obuyinza bwaisu buva eri Katonda; 6era eyatusoboleserye ng'abaweereza b'endagaano engyaaka; ti baweereza be nyukuta, wabula ab’omwoyo: kubanga enyukuta eita; naye omwoyo guleeta obulamu.7Naye oba nga okuweereza okw’okufa okwabbaire mu nyukuta, okwasaliibwe ku mabbaale, kwaiziire mu kitiibwa, abaana ba Isiraeri n'okuyinza ne batayinza kwekalirirya maiso ga Musa olw'ekitiibwa ky’amaiso ge; ekyabbaire kyaba akuwaawo: 8okuweereza okw'omwoyo tekulisinga kubba ne kitiibwa?9Kuba oba ng’okuweereza okw'omusango niikyo ekitiibwa, okuweereza okw'obutuukirivu kweyongera inu okusukirirya ekitiibwa. 10Kubanga ekyaweweibwe ekitiibwa tekyakiweweibwe mu kigambo kino, olw'ekitiibwa ekisinga ekyo. 11Kuba oba ng'ekyaweirewo kyabbaire ne ekitiibwa, eky'olubeerera kisinga einu okubba n’ekitiibwa.12Kale nga bwe tulina eisuubi eryenkana awo, tutumula n'obuvumu bungi 13so ti nga Musa eyeebikanga ku maiso ge, abaana ba Isiraeri balekenga okwekalisisya enkomerero y'ekyo ekyabbaire kiwaawo:14naye amagezi gaabwe gaakakanyalibwe: kubanga n'okutuusia atyanu eky'okuboneraku kidi kikaali kiriwo mu kusomebwa kw'endagaanu ey'eira nga kikaali kutolebwawo; ekyo kivaawo mu Kristo. 15Naye n'okutuusia atyanu, ebya Musa bwe bisomebwa, eky'okuboneraku kiri ku mwoyo gwabwe. 16Naye bwe gukyukira Mukama waisu, eky'okuboneraku kiwaaawo.17Naye Mukama waisu niigwo Mwoyo: era awaba Omwoyo gwa Mukama waisu niiwo waba eidembe. 18Naye ife fenafena, bwe tumasamasa ng'endabirwamu ekitiibwa kya Mukama waisu amaaso gaisu nga gatoleibweku eky'okuboneraku, tufaananyizibwa engeri edi okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, nga ku bwa Mukama waisu Omwoyo.
1Kale, kubanga tulina okuweereza okwo, nga bwe twasaasiirwe, tetwiriirira: 2naye twagaine eby'ensoni ebikisibwa, nga tetutambulira mu bukuusa, so tetukyamya kigambo kya Katonda; naye olw'okubonesya amazima nga twetendereza eri omwoyo gwa buli muntu mu maiso ga Katonda.3Naye okubikibwaku oba ng'enjiri yaisu ebikibwaku, ebikibwaku mu abo abagota: 4katonda ow'emirembe gino be yazibibire amaiso g'amagezi gaabwe abataikirirya, omusana gw'enjiri ey'ekitiibwa eya Kristo, oyo niikyo ekifaananyi kya Katonda, gulekenga okubaakira.5Kubanga tetwebuuliire fenka, wabula Kristo Yesu nga niiye Mukama waisu, feena nga tuli baidu banyu ku lwa Yesu. 6Kubanga Katonda niiye yatumwire nti Omusana gulyaka mu ndikirirya, eyayakire mu myoyo gyaisu, okuleeta omusana ogw'okutegeera ekitiibwa kya Katonda mu maiso ga Yesu Kristo.7Naye obugaiga obwo tuli nabwo mu bibya eby'eibbumba, amaani amangi einu kaisi gavenga eri Katonda, so ti eri ife; 8tutaayizibwa eruuyi n'eruuyi, naye tetunyigirizibwa; tweraliikirira, so ti kweraliikiririra dala: 9tuyigayizibwa, naye tetulekebwa; tukubbibwa, naye tetuzikirira; 10bulijjo nga tutambula nga tulina mu mubiri okwitibwa kwa Yesu, era obulamu bwa Yesu kaisi bubonesebwenga mu mubiri gwaisu.11Kubanga ife abalamu tuweebwayo enaku gyonagyona eri okufa okutulanga Yesu, era n'obulamu bwa Yesu kaisi bubonesebwenga mu mubiri gwaisu ogufa. 12Kityo okufa kukolera mu ife, naye obulamu mu imwe.13Naye nga tulina omwoyo gudi ogw'okwikirirya, nga bwe kyawandiikiibwe nti Naikirirye, Kyenaviire ntumula era feena twikirirya, era kyetuva tutumula; 14nga tumaite ng'oyo eyazuukizirye Mukama waisu Yesu, era Feena alituzuukizia wamu ne Yesu, era alitwanjulira wamu naimwe. 15Kubanga byonabyona biri ku bwanyu, ekisa ekyo bwe kyeyongera olw'abangi kaisi kyongeryenga okwebalya Katonda aweebwe ekitiibwa.16Kyetuva tuleka okwiririra; naye waire omuntu waisu w'okungulu ng'awaawo, naye omuntu waisu ow'omunda afuuka muyaaka buliijo buliijo. 17Kubanga okubonaabona kwaisu okutazitowa, okw'ekiseera ekya eky'atyanu, kwongerayongera inu okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky'emirembe n’emirembe; 18ife nga tetulingilira ebiboneka, wabula ebitaboneka: kubanga ebiboneka bye kiseera; naye ebitaboneka bye mirembe ne mirembe.
1Kubanga tumaite nti, oba ng'enyumba yaisu ey'ensiisira ey'omu nsi eryabizibwa, tulina eyazimbiibwe eva eri Katonda, enyumba etaazimbiibwe ne mikono, ey'emirenbe n'emirembe, ey'omu igulu. 2Kubanga tusindira mu eno, nga twegomba okuvaalisibwa enyunba yaisu eriva mu igulu: 3bwe tulivaalisibwa, koizi tuleke okusangibwa nga tuli bwereere.4Kubanga ife abali mu nsiisira eno tusinda, nga tuzitoowererwa; ti kubanga tutaka okwambula, wabula okuvaalisibwa, ogwo ogufa kaisi gumirwe obulamu. 5Naye eyatukoleire ekyo niiye Katonda, eyatuwaire omusingo ogw'Omwoyo.6Kyetuva tuguma omwoyo enaku gy'onagyona, era tumanya nga bwe tubba mu mubiri tubba wala Mukama waisu 7(kubanga tutambula olw'okwikirirya, ti lwo kubona); 8tuguma omwoyo, era kino niikyo kye tusinga okutaka, okubba ewala omubiri n'okubba Mukama waisu gy'ali.9Era kyetuva tufuba, oba nga tukaali muuno, oba nga tuli wala, okusiimibwa iye. 10Kubanga ife feena kitugwanira okubonesebwa Kristo aw'alisalira emisango; buli muntu aweebwe bye yakole mu mubiri, nga bwe yakolere, oba bisa oba bibbbiibi.11Kale, bwe tumanya entiisia ya Mukama waisu, tusendasenda abantu, naye tubonesebwa eri Katonda: era nsuubira nga tubonesebwa ne mu myoyo gyanyu. 12Tetwetendereza ate eri imwe, wabula okubawa imwe kye mwasinziirangaku okwenyumirizianga ku lwaisu, kaisi mubbenga n'eky'okubairamu abeenyumirizia mu maiso, so ti mu mwoyo.13Kuba oba nga tulalukire, tulalukire eri Katonda; oba nga twegendereza, twegendereza eri imwe. 14Kubanga okutaka kwa Kristo kutuwalirizia, nga tulowooza tuti ng'omumu yabafiiriire bonabona, bonabona kyebaaviire bafa; 15naye yafiriire bonabona, abalamu balekenga okubba abalamu ate ku bwabwe bonka, wabula ku bw'oyo eyabafiiriire n'azuukira.16Okusooka atyanu kyetuva tuleka okumanya omuntu yenayena mu mubiri: okumanya waire nga twamalire Kristo mu mubiri, naye atyanu tetukaali tumaite ate tutyo. 17Omuntu yenayena bw'abba mu Kristo kyava abba ekitonde ekiyaaka: eby'eira nga biweirewo; bona, nga bifuukire biyaaka.18Naye byonabyona biva eri Katonda, eyatutabaganyire naye yenka ku bwa Kristo, n'atuwa ife okuweereza okw'okutabaganya; nti 19Katonda yabbaire mu Kristo ng'atabaganya ensi naye mweene, nga tababalira bibbiibi byabwe, era nga yatugisisirye ife ekigambo eky'okutabaganya.20Kyetuva tubba ababaka mu kifo kya Kristo, Katonda ng'afaanana ng'abeegayirira mu ife: tubeegayirira mu kifo kya Kristo mutabagane ne Katonda. 21Atamaite kibbiibi, yamufwiire ekibbiibi ku lwaisu; ife kaisi tufuuke obutuukirivu bwa Katonda mu iye.
1Era bwe tukolera emirimu awamu naye tubeegayirira obutaweerwa bwereere kisa kya Katonda 2(kubanga atumula nti mu biseera eby'okwikiriribwamu nakuwuliire, Ne ku lunaku olw'obulokozi nakuyambire: bona, atyanu niibyo ebiseera eby'okwikiriribwamu; bona, atyanu niilwo lunaku olw'obulokozi): 3nga tetuleeta nkonge yonayona mu kigambo kyonakyona, okuweereza kwaisu kulekenga okunenyezebwa;4naye mu byonabyona nga twetendereza ng'abaweereza ba Katonda, mu kuguminkiriza okungi, mu bibonoobono, mu kwetaaga, mu naku, 5mu kukubbibwa, mu kusibibwa, mu kukaayana, mu kufuba, mu kumoga, mu kusiiba; 6mu bulongoofu, mu kutegeera, mu kugumiikiriza, mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, mu kutaka okubulamu obunanfuusi; 7mu kigambo eky'amazima, mu maani ga Katonda; olw'ebyokulwanisia eby'obutuukirivu mu mukono omuliiro n'omugooda,8olw'ekitiibwa n'olw'okunyoomebwa, elw'okuvumibwa n'olw'okusiimibwa; ng'ababbeyi, era naye ab'amazima; 9ng'abatategeerebwa, era naye abategeerebwa einu; ng'abafa, era, bona, tuli balamu; ng'ababonerezebwa, era ne tutaitibwa; 10ng'abanakuwala, naye abasanyuka buliijo; ng'abaavu, naye abagaigawalya abangi; ng'ababula ekintu, era naye abalina dala byonabyona.11Omunwa gwaisu gwasamiibwe eri imwe, Abakolinso, omwoyo gwaisu gugaziwire. 12Temufundire mu ife, naye mufundire mu myoyo gyanyu. 13Naye kaisi munsasule mutyo (mbabuulira ng'abaana bange), mweena mugaziwe.14Temwegaitanga na bataikirilya kubanga temwekankana: kubanga obutuukirivu n'obujeemu bugabana butya? oba omusana gwikirirya kimu gutya n'endikirirya? 15Era Kristo atabagana atya ne Beriyali? oba mugabo ki eri omwikirirya n'atali mukirirya? 16Era yeekaalu ya Katonda yeegaita etya n'ebifaananyi? kubanga ife tuli yeekaalu ya Katonda omulamu; nga Katonda bwe yatumwire nti Nabbanga mu ibo, ne ntambuliranga mu ibo; nzeena naabbanga Katonda waabwe, boona baabbaanga bantu bange.17Kale Muve wakati w'abo, mweyawule, bw'atumula Mukama: So temukwaatanga ku kintu ekitali kirongoofu; Nzeena ndibasembezia. 18Era naabbanga Itawanyu gye muli, Mweena mwabbanga gye ndi abaana ab'obwisuka n'ab'obuwala, bw'atumula Mukama Omuyinza w'ebintu byonabyona.
1Kale bwe tulina Ebyasuubiziibwe ebyo, abaatakibwa, twenaabyengaku obugwagwa bwonabwona obw'omubiri n'obw'omwoyo, nga tutuukirirya obutukuvu mu kutya Katonda2Mutukirirye: tetwonoonanga muntu yenayena, tetwiguliriranga muntu yenayena, tetulyazaamaanyanga muntu yenayena: 3Tintumwire kubanenya: kubanga eira natumwire nga muli mu myoyo gyaisu okufiira awamu naimwe n'okubba abalamu awamu naimwe. 4Ntumula n'obuvumu bungi eri imwe, neenyumirizia inu ku lwanyu: ngizwiire Inu eisanyu, nsukiriire okujaguza mu bibonoobono byaisu byonabyona.5Kubanga era bwe twaizire mu Makedoni, omubiri gwaisu ne gutabona kuwummula n'akatono, naye ne tubonaabona eruuyi n'eruuyi; ewanza wabbaireyo entalo, mukati mwabbairemu okutya. 6Naye asanyusia abawombeefu niiye Katonda, n'atusanyusa ife, olw'okwiza kwa Tito; 7so ti lwo kwiza kwe kwonka, era naye olw'okusanyusibwa kwe yasanyusiibwe mu imwe, bwe yatubuuliire okwegomba kwanyu, okunakuwala kwanyu, okunyiinkira kwanyu ku lwange; nzeena Kyenaviire neeyongera okusanyuka.8Kuba waire nga nabanakuwairye n'ebbaluwa yange, tinejusa, waire nga namalire okwejusa; kubanga mboine ng'ebbaluwa eyo yabanakuwairye, waire nga yabanakuwairye kaseera. 9Atyanu nsanyukire, tinsanyukire kubanga mwanakuwaziibwe, naye kubanga mwanakuwaire n'okwenenya ne mwenenya: kubanga mwanakuwaire eri Katonda, muleke okufiirwa mu kigambo kyonakyona ku bwaisu. 10Kubanga okunakuwala eri Katonda kuleeta okwenenya okw'obulokozi okutejusibwa: naye okunakuwala okw'omu nsi kuleeta okufa11Kubanga, bona, okunakuwala okwo eri Katonda nga kwabaleeteire okufuba okungi, era n'okuwozia ensonga yanyu, era n'okusunguwala, era n'okutya, era n'okwegomba, era n'okunyiinkira, era n'okuwalana eigwanga! Mu byonabyona mwetegeeza nga muli balongoofu mu kigambo ekyo. 12Kale waire nga Nabawandiikiire, tinawandiikire ku lw'oyo eyakolere obubbiibi; waire ku lw'oyo eyakolere obubi, wabula okunyiinkira kwanyu ku lwaisu kaisi kubonesebwe eri imwe mu maiso ga Katonda.13Kyetwaviire tusanyusibwa: ne mu kusanyusibwa kwaisu, ne tweyongera inu okusanyuka olw'eisanyu lya Tito, kubanga omwoyo gwe gwawumuziibwe imwe mwenamwena. 14Kuba oba nga neenyumirizia mu kigambo kyonakyona ku lwanyu eri oyo, tinakwatiibwe nsoni; naye nga bwe twababuuliire byonabyona mu mazima, era kutyo n'okwenyumirizia kwaisu eri Tito kwabbaire kwa mazima.15N'okutaka kwe okw'omunda kweyongeire inu dala okubba gye muli, ng'aijukira okugonda kwanyu mwenamwena, bwe mwamusembezerye n'okutya n'okutengera. 16Nsanyukire kubanga mu byonabyona nguma omwoyo mu imwe.
1Era tubategeezia, ab'oluganda, ekisa kya Katonda ekyaweweibwe mu kanisa egy'e Makedoni; 2mu kubonaabona okwabakemere einu eisanyu lyabwe eryasukiriire, n'obwavu bwabwe obwayingire obungi byasukiriire mu bugaiga obw'obugabi bwabwe.3Kubanga, ntegeeza ibo, bagabire bonka nga bwe basobola era n'okusinga obuyinza bwabwe, 4nga batusaba n'okwegayirira okungi olw'ekisa ekyo n'okwikirirya ekimu okwo mu kuweereza abatukuvu; 5so ti nga bwe nabbaire ndowooza, naye baasookere okwewaayo bonka eri Mukama waisu, n'eri ife mu kutaka kwa Katonda.6Kyetwaviire tubuulirira Tito, nga bwe bweyatandikire eira, era atyo kaisi akituukirirye era n'ekisa ekyo gye muli. 7Naye nga bwe musukirira mu byonabyona, mu kukirirya, no mu kutumula, no mu kutegeera, no mu kufuba kwonakwona, no mu kutaka kwanyu eri ife, era musukirirenga no mu kisa ekyo.8Tintumula nga mbalagira bulagili, wabula olw'okufuba kw'abandi nga nkema okutaka kwanyu nga kwa mazima. 9Kubanga mutegeera ekisa kya Mukama waisu Yesu Kristo, nti bwe yabbaire omugaiga, naye n'afuuka omwavu ku lwanyu, obwavu bwe kaisi bubagaigawalye imwe.10Era mbakobere kye ndowooza olw'ekyo: kubanga kibasaanira imwe, abaasookere okutandiika, ti kukola kwonka, era naye n'okutaka, nga mwakamala omwaka gumu. 11Naye atyanu mutuukirirye n'okukola; nga bwe waaliwo okutaka amangu, era n'okutuukirirya kutyo kaisi kubbeewo, nga bwe muyinza. 12Kuba oba nga waliwo okutaka amangu, kwikirizibwa ng'omuntu bw'alina, ti nga bw'abula.13Kubanga tintumwire ntyo, abandi bawumulibwe naimwe muteganyizibwe: 14wabula olw'okwekankana, okusukirira kwanyu kuweereze okwetaaga kwabwe atyanu mu biseera bino, era n'okusukirira kwabwe kaisi kuweererye okwetaaga kwanyu; okwekankana kubbewo: 15nga bwe kyawandiikiibwe nti Eyakuŋanyanga enyingi, teyasigaziangawo; naye eyakuŋŋaanyanga akatono, teyeetaaganga.16Naye Katonda yeebazibwe, eyateekere mu mwoyo gwe Tito okufuba okwo ku lwanyu. 17Kubanga okwikirirya aikirirya okubuulirira kwaisu; kubanga yeena mweene alina okufuba okungi, asitula okwaba gye muli nga yeetuma.18Era tutuma wamu naye ow'oluganda, atenderezebwa mu njiri mu kanisa gyonagyona; 19so ti ekyo kyonka, era so naye oyo niiye yalondeibwe ekanisa okutambula naife olw'ekisa ekyo, kye tuweereza ife Mukama waisu aweebwe ekitiibwa, era tulage okutaka kwaisu amangu:20nga twewala ekyo, omuntu obutatunenya olw'ekirabo kino kye tuweereza: 21kubanga tuteekateeka ebisa, ti mu maiso ga Mukama waisu mwonka, era naye ne mu maiso g'abantu.22Era tutuma wamu nabo muganda waisu, gwe twakemanga emirundi emingi mu bigambo ebingi nga munyiikivu, naye atyanu munyiikivu inu okusingawo, olw'okwesiga okungi kw'alina eri imwe. 23Omuntu bw'eyabuulyanga ebya Tito, niiye aikirirya ekimu nanze era niiye mukozi munange eri imwe; oba bya baganda baisu, niibo ababaka ab'ekanisa, abo niikyo ekitiibwa kya Kristo. 24Kale mubalage mu maiso g'ekanisa ekindi okutaka kwanyu n'okwenyumiriza kwaisu ku lwanyu.
1Kubanga eby'okuweereza abatukuvu tekineetaagisia kubibawandiikira: 2kubanga maite okutaka kwanyu, kwe neenyumiririziamu eri ab'e Makedoni ku lwanyu, nga Akaya yaakamala omwaka gumu okweteekateeka; n'okunyiikira kwanyu kwakubbirizirye bangi mu ibo.3Naye ntuma ab'oluganda, okwenyumirizia kwaisu ku lwanyu kuleke okuba okw'obwereere mu kigambo ekyo; nga bwe ntumwire, kaisi mweteeketeeke: 4koizi ab'e Makedoni abandi bwe baliiza nanze, bwebalibasanga nga temweteekereteekere, ife (obutatumula imwe) tuleke okukwatibwa ensoni mu kusuubira okwo. 5Kyenviire ndowooza nga kiŋwaniire okwegayirira ab'oluganda, bantangire: okwiza gye muli, basooke balongoose omukisa gwanyu gwe mwasuubizirye eira, kaisi gweteeketeeke, ng'omukisa, so ti ng'ekisoloozebwa.6Naye kye ntumwire kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga enyingi, alikungula nyingi. 7Buli muntu akolenga nga bw'amaliire mu mwoyo gwe; ti lwe naku, waire olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ataka oyo agaba n'eisanyu.8Era Katonda ayinza okwalya ekisa kyonakyona gye muli imwe nga mulina ebibamala byonabyona enaku gy'onagyona mu bigambo byonabyona Kaisi musukirirenga mu bikolwa byonabyona ebisa: 9nga bwe kyawandiikiibwe nti niiye asasaanya, niiye agabira abaavu; Obutuukirivu bwe bwo lubeerera emirembe gyonagyona.10Era oyo awa ensigo omusigi n'emere ey'okulya, anaabawanga, yabongerangaku ensigo gyanyu; era yayalyanga ebibala eby'obutuukirivu bwanyu: 11nga mugaigawazibwa mu byonabyona mukolenga obugabi bwonabwona, obwebalisia Katonda mu ife.12Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo tekwizula bwizuli ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukirira olw'okwebalya okungi eri Katonda; 13kubanga olw'okukemebwa kwanyu mu kuweereza kuno batendereza Katonda olw'okugonda okw'okwatula kwanyu eri enjiri ya Kristo, n'olw'obugabi bw'okugabana kwanyu eri bo n'eri bonabona; 14era ibo bonka nga balumirwa imwe emyoyo mu kubasabira olw'ekisa kya Katonda ekitasingika mu imwe: 15Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekitatumulikika.
1Naye nze mweene Pawulo mbeegayirira olw'obwikaikamu n'obuwombeefu bwa Kristo, nze gwe mutoowaza bwe mba mbulawo njetebwa muzira; 2kale mbeegayirira bwegayiriri, lwe ndibbaawo ndeke okubalaga obuzira obwo bwe ndowooza okubba nabwo eri abandi abalowooza nga ife tutambuIa okusengereryanga omubiri.3Kuba waire nga tutambulira mu mubiri, tetulwana kusengereryanga mubiri 4(kubanga ebyokulwanisia eby'entalo gyaisu ti byo mubiri, naye bya maani eri Katonda olw'okumenya ebigo);5nga tumenya empaka na buli kintu ekigulumivu ekikudumbalibwa okulwana n'okutegeera kwa Katonda, era nga tujeemulalula buli kirowoozo okuwulira Kristo; 6era nga tweteekereteekere okuwalana eigwanga ku butagonda bwonabwona, okugonda kwanyu bwe kulituukirira.7Mulingirire ebintu nga bwe biri. Omuntu yenayena bwe yeewulira mudi nga wa Kristo yeerowoozie kino ate yenka nti nga iye bw'ali owa Kristo, era feena tutyo. 8Kubanga ne bwe ndisukirira okwenyumirizia olw'obuyinza bwaisu (Mukama waisu bwe yatuwaire olw'okubazimba, so ti lwa kubasuula), tindikwatibwa nsoni:9ndeke okufaanana ng'abatiisia n'ebbaluwa gyange. 10Kubanga batumula nti Ebbaluwa ijo nzibu, gya maani; naye bw'abbaawo omubiri gwe munafu, n'okutumula kwe ti kintu.11Ali atyo alowooze kino nti nga bwe tuli mu bigambo mu bbaluwa nga tetubulayo, era tutyo bwe tuli mu bikolwa nga tuli eyo. 12Kubanga tetwaŋanga kwerowooza nga tuli ku muwendo gw'abandi ku ibo abeetenderezia bonka waire okwegeraageranya nabo: naye ibo bonka nga beegezia bonka na bonka, era nga beegeraageranya bonka na bonka, babula magezi.13Feena ife tetulyenyumirizia okusinga ekigera kyaisu, wabula mu kigera eky'ensalo Katonda gye yatugabiire okubba ekigera, era n'okutuuka ne gye muli: 14Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera ng'abatatuuka gye muli: kubanga era twaizire n'okutuuka gye muli mu njiri ya Kristo:15nga tetwenyumiriza okusinga ekigera kyaisu mu mirimu egy'abandi: naye nga tusuubira, okwikirirya kwanyu bwe kukula okugulumizibwa mu imwe ng'ensalo yaisu bw'eri okusukirira, 16era n'okubuulira enjiri mu bifo ebiri ewala okusinga imwe, era obuteenyumirizia mu nsalo ey'abandi olw'ebyeteekereteekere.17Naye Eyenyumirizia yeenyumirizienga mu Mukama waisu. 18Kubanga eyeetendereza yenka ti niiye asiimibwa, wabula Mukama waisu gw'atendereza.
1Singa mungumiinkiriza mu busirusiru obutono; era naye mungumiinkirize. 2Kubanga mbakwatirwa eiyali lya Katonda: kubanga nabafumbizirye ibawanyu mumu, kaisi mbaleete eri Kristo ng'omuwala omulongoofu.3Naye ntiire, ng'omusota bwe gwabbeyere Kaawa mu bukuusa bwagwo, koizi ebirowoozo byanyu okwonoonebwanga mu kubona wamu no mu bulongoofu ebiri eri Kristo. 4Kuba oyo aiza bw'abuulira Yesu ogondi gwe tutabuuliire, oba bwe muweebwa omwoyo ogondi gwe mutaaweweibwe, oba njiri gendi, gye mutaikiriirye, mukola kusa okumugumiinkirizia.5Kubanga ndowooza nga tisingibwa n'akatono abatume abakulu einu. 6Naye waire nga ndi muligo mu bigambo, naye tindi muligo mu kutegeera; naye mu byonabyona twakubonekerye mu bantu bonabona eri imwe.7Oba nayonoonere bwe neetoowazia nzenka imwe mugulumizibwe kubanga nababuuliire enjiri ya Katonda ey'obwereere? 8Nanyagire ekanisa egendi, nga mpeebwa empeera olw'okubaweereza imwe; 9era bwe nabbaanga naimwe nga neetaaga, tinazitoowereranga muntu yenayena; kubanga ab'oluganda bwe baaviire mu Makedoni, baatuukiriirye ebyabbaire bingotere; ne mu byonabyona neekuumire obutabazitoowereranga, era neekuumanga ntyo.10Ng'amazima ga Kristo bwe gali mu nze, wabula alinziyizia okwenyumirizia okwo mu nsalo egy'e Yakaya. 11Lwaki? kubanga timbataka? Katonda amaite.12Naye bwe nkola, era bwe naakolanga, mbatolerewo awasinziirwa abo abataka awasinziirwa, baboneke era nga ife mu kigambo kye beenyumiririziamu. 13Kubanga abali ng'abo niibo abatume ab'obubbeyi, abakozi ab'obukuusa, abeefaananya ng'abatume ba Kristo.14So ti kya magero; kubanga ne Setaani yeefaananya nga malayika ow'omusana. 15Kale ti kitalo era n'abaweereza be bwe beefaananya ng'abaweereza ab'obutuukirivu; enkomerero yaabwe eribba ng'ebikolwa byabwe.16Ntumula ate nti Omuntu yenayena aleke okundowooza nga ndi musirusiru; naye okulowooza bwe mundowooza mutyo, naye munsemberye ng'omusirusiru, nzeena neenyumirizieku akatono. 17Kye ntumula, tinkitumula nge ekigambo kya Mukama waisu, naye nga mu busirusiru, mu buvumu buno obw'okwenyumirizia. 18Kubanga bangi abeenyumirizia mu mubiri, nzeena neenyumirizia.19Kubanga mugumiinkiriza n'eisanyu abasirusiru, kubanga imwe muli bagezigezi. 20Kubanga mugumiinkiriza omuntu, bw'abafuula abaidu, bw'abamira, bw'abawamba, bwe yeegulumizia, bw'abakubba amaiso. 21Ntumwire olw'okweswaza, ng'abanafuwala. Naye omuntu yenayena ky'agumira (ntumula mu busirusiru), nzeena nguma.22Ibo Bebulaniya? nzeena. Ibo Baisiraeri? nzeena. Ibo izaire lya Ibulayimu? nzeena. 23Ibo baweereza ba Kristo? (ntumula ng'omulalu) nze mbasinga; mu kufuba mbasukirira, mu kusibibwa mbasukkirira, mu kukubbibwa okuyingirira einu, mu kufa emirundi emingi.24Eri Abayudaaya nakubbiibwe emirundi itaanu emiigo amakumi asatu mu mwenda. 25Emirundi eisatu nakubbiibwe enga, omulundi gumu nakasuukiriirwe amabbaale, emirundi isatu eryato lyamenyekere, nagonere ne nsiiba mu buliba; 26mu kutambulanga emirundi emingi, mu bubbiibi obw'emiiga, mu bubbiibi obw'abanyagi, mu bubbiibi obuva eri eigwanga lyange, mu bubbiibi obuva eri ab'amawanga, mu bubbiibi obw'omu kibuga, mu bubbiibi obw'omu idungu, mu bubbiibi obw'omunyanza, mu bubbiibi obw'ab'oluganda ab'obubbeyi;27mu kufuba n'okukoowa, mu kumoganga emirundi emingi, mu njala n'enyonta, mu kusiibanga emirundi emingi, mu mpewo n'okubba obwereere. 28Obutateekaku bye wanza, waliwo ekinzitoowerera buliijo buliijo, okwerariikiriranga olw'ekanisa gyonagyona. 29Yaani omunafu, nzeena bwe Ntabba munafu? Yaani eyeesitazibwa, nzeena bwe ntayaaka?30Oba nga kiŋwaniire okwenyumirizia, neenyumirizianga olw'eby'obunafu bwange. 31Katonda Itaaye wa Mukama waisu Yesu, eyeebalibwa emirembe gyonagyona, amaite nga timbeeya.32Mu Damasiko ow’eisaza owa Aleta kabaka yateegere ekibuga eky'Abadamasiko, kaisi ankwate: 33ne bambitya mu dirisa nga ndi mu kiibo ku bugwe, ne ndokoka okuva mu mikono gye.
1Kiŋwaniire okwenyumirizia, waire nga tekusaana; naye ke njabe mu kwolesebwa n'okubikuliwa kwa Mukama waisu. 2Maite omuntu mu Kristo, eyaakamala emyaka eikumi n'eina (oba mu mubiri, timaite; oba awabula mubiri, timaite; Katonda amaite), okutwalibwa omuntu ali atyo mu igulu ery'okusatu.3Era, maite omuntu ali atyo (oba mu mubiri, oba awabula omubiri, timaite; Katonda amaite), 4bwe yatwaliibwe mu lusuku lwa Katonda, n'awulira ebigambo ebitatumulikika, ebitasaanira muntu kubyatula. 5Ku bw'omuntu ali atyo neenyumirizianga: naye ku bwange tindyenyumirizia, wabula mu by'obunafu bwange.6Kuba singa yatakire okwenyumirizianga, tinandibbaire musirusiru; kubanga nanditumwire amazima: naye ndeka, omuntu yenayena alekenga okundowooza okusinga bw'ambona oba bw'ampulira. 7N'olw'obukulu obusinga einu obw'ebyo ebyabikulibwe, ndekenga okugulumizibwa einu, Kyenaviire mpeebwa eiwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okunkubbanga, ndekenga okugulumizibwa einu.8Olw'ekigambo ekyo neegayiriire Mukama waisu emirundi eisatu, kinveeku. 9N'ankoba nti Ekisa kyange kikumala: kubanga amaani gange gatuukiririra mu bunafu. Kyenaavanga neenyumirizia n'eisanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaani ga Kristo kaisi gasiisire ku nze. 10Kyenva nsanyukira eby'obunafu, okukolerwanga eky'eju, okwetaaganga, okuyiganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow'amaani.11Nfuukire musirusiru: imwe mwampalirizirye; kubanga nagwaniire okutenderezebwa imwe; kubanga tinasiingiibwe mu kigambo kyonakyona abatume abakulu einu, waire nga nze tindi kintu. 12Mazima obubonero obw'omutume bwakolerwanga ewanyu mu kuguminkiriza kwonakwona, mu bubonero n'eby'amagero n'eby'amaani. 13Kubanga kiki ekanisa egendi kye gyabasingiiremu, wabula nze nzenka obutabazitoowereranga? munsonyiwe ekyonoono ekyo.14Bona, omulundi ogw'okusatu atyanu neeteekereteekere okwiza gye muli; so tindibazitoowerera: kubanga tinsagira byanyu, wabula imwe: kubanga tekigwanira abaana okugisiranga abakaire, wabula abakaire okugisiranga abaana. 15Era ndiwaayo era ndiweebwayo n'eisanyu eringi olw'obulamu bwanyu. Bwe nsinga okubalagala einu, ntakibwa katono?16Naye ti musango, nze tinabazitoowereire, naye, bwe nabbaire omugerengetanya, nabateegere mu lukwe. 17Omuntu yenayena gwe nabatumiire namufunisirye amagoba eri imwe? 18Nabuuliriire Tito, ne ntuma ow'oluganda awamu naye. Tito yafunire amagoba eri imwe? tetwatambwire n'Omwoyo mumu? tetwatambuliire mu kisinde kimu?19Obw'eira mulowoozere nga ife tubawolezia ensonga. Mu maiso ga Katonda tutumulira mu Kristo. Naye byonabyona, abatakibwa, byo kubazimba imwe.20Kubanga ntire, bwe ndiiza, koizi okubasanga nga mufaanana nga bwe ntataka, nzeena imwe muleke okunsanga nga nfaanana nga bwe mutataka; koizi okubba eyo okutongana, eiyali, obusungu, empaka, okulyolyoma, okugeya, okwegulumizia, okujeema; 21bwe ndiiza ate, Katonda wange aleke okuntoowaza eri imwe, nanze okubanakuwalira abangi abaayonookere eira ne bateenenya obugwagwa n'obwenzi n'obukaba bwe baakola.
1Atyanu ngiza gye muli omulundi ogw'okusatu. Mu munwa gw'abajulizi ababiri oba basatu buli kigambo kirinywera. 2Naboneka era mboneka, nga bwe nakolere bwe nabbaire eyo omulundi ogw'okubiri, era ne atyanu ntyo nga mbulayo, mbakoba abo abaayonoonere eira n'abandi bonabona, nti bwe ndiiza ate, tindisaasira;3kubanga munsagira ekitegeeza nga Kristo atumulira mu nze; atali munafu eri imwe, naye alina amaani mu imwe: 4kubanga yakomereirwe olw'obunafu, naye mulamu olw'amaani ga Katonda. Kubanga feena tuli banafu mu iye, naye tuliba balamu awamu naye olw'amaani ga Katonda eri imwe.5Mwekebere mwenka oba nga muli mu kwikirirya; mwekeme mwenka. Oba temwetegeera mwenka nga Yesu Kristo ali mu imwe? wabula nga muli abatasiimibwa. 6Naye nsuubira nga mulitegeera nga ife tetuli batasiimibwa.7Era tusaba Katonda imwe mulekenga okukola obubbiibi bwonabwona; ti niife okuboneka ng'abasiimibwa, wabula imwe okukolanga obusa ife ne bwe tulibba ng'abatasiimibwa. 8Kubanga tetuyinza kuziyizia mazima, wabula okugayamba.9Kubanga tusanyuka ife bwe tuba abanafu, mweena bwe mubba n'amaani: era na kino tukisaba, imwe, okutuukirira. 10Kyenviire mpandiika ebyo nga tindi eyo, bwe mba eyo ndeke okubba omukambwe, ng'obuyinza bwe buli Mukama waisu bwe yampaire olw'okuzimba, so ti lwo kumenya.11Eky'enkomerero, ab'oluganda, mweraba. Mutuukirire; musanyusibwe; mulowooze bumu; mubbe n'emirembe: ne Katonda ow'okutaka n'emirembe yaabbanga naimwe. 12Musugiryagane n'okunywegera okutukuvu. Abatukuvu bonabona babasugirye.13Ekisa kya Mukama waisu Yesu Kristo, n'okutaka kwa Katonda, n'okwikirirya ekimu okw'Omwoyo Omutukuvu, bibbenga naimwe mwenamwena.
1v1 Pawulo omutume (ataviire mu bantu waire okubita eri omuntu, wabula eri Yesu Kristo ne Katonda Itawaisu, eyamuzuukizirye mu bafu), 2n'ab'oluganda bonabona abali nanze tubawandiikiire ekanisa egy'e Galatiya:3ekisa kibbenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Itawaisu, ne Mukama waisu Yesu Kristo, 4eyeewaireyo olw'ebibbiibi byaisu, kaisi atutoole mu mirembe gino egiriwo emibbiibi nga bwe yatakire Katonda era Itawaisu: 5aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.6Neewuunya kubanga musenguka mangu mutyo eyabetere mu kisa kya Kristo okwaba eri enjiri efaanana obundi; 7ti gendi, wabula abantu ababateganya, abataka okukyusirya dala enjiri ya Kristo.8Naye oba nga ife oba malayika ava mu igulu bw'abuuliranga enjiri wabula nga bwe twababuuliire, akolimirwenga. 9Nga bwe twasookere okutumula, ntyo bwe ntumula atyanu ate nti Omuntu bw'ababuuliranga enjiri wabula nga bwe mwaweweibwe, akolimirwenga. 10Kubanga atyanu mpembera bantu aba Katonda? Oba nsala amagezi okusiimibwa abantu? Singa nabbaire nga nkaali nsiimibwa abantu, tinandibbaire mwidu wa Kristo.11Kubanga mbategeeza, ab'oluganda, nti enjiri eyabuuliirwe nze ti ya buntu: 12kubanga nzena tinagiweweibwe muntu so tinjigirizibwanga, naye mu kubikkuliwa kwa Yesu Kristo.13Kubanga mwawuliire bwe nabbanga eira mu mpisa gy'Ekiyudaaya, nga nayiganyanga ekanisa ya Katonda awabula kigera ne nginyaga, 14ne mbitiririanga mu mpisa gy'Ekiyudaaya okusinga bangi bwe twakulire mu igwanga lyaisu, nga mbasinganga okubba n'eiyali eringi einu mu mpisa gye naweweibwe bazeiza bange15Naye Katonda bwe yasiimire, eyanjawiire okuva mu kida kya mawange, n'anjeta olw'ekisa kye, 16okubikulira Omwana we mu nze, kaisi mubuulirenga mu b'amawanga; amangu ago tinateserie na mubiri waire no musaayi: 17so tinayambukire Yerusaalemi eri abo abansookere okubba abatume: naye nayabire mu Buwalabu, ne ngira ate mu Ddamasiko.18Awo bwe wewabitirewo emyaka eisatu ne nyambuka e Yerusaalemi okubona Keefa, ne malayo gy'ali enaku ikumi na itaanu. 19Naye tinaboine ogondi ku batume wabula Yakobo muganda wa Mukama waisu. 20Kale, bye mpandiika, bona, mu maiso ga Katonda timbeeya.21Awo ne njaba mu njuyi egy'e Busuuli ne Kirukiya. 22Ne mba nga nkaali kutegeerebwa mu maiso g'ekanisa egy'e Buyudaaya egiri mu Kristo: 23naye ne bawuliranga buwuliri nti Eyatuyiganyanga eira atyanu abuulira okwikiriria kwe yanyaganga eira. 24ne bagulumizia Katonda ku lwange.
11 Awo oluvanyuma, emyaka bwe gyabitirewo ikumi n'aina, naninire e Yerusaalemi wamu ne Balunabba ne ntwala ne Tito. 2Nanininireyo lwa kubikkuliwa; ne mbanjulira enjiri, gye mbuulira mu b'amawanga, naye mu kyama eri abo abaatenderezeibwe, mpozi ndeke okugenderanga obwereere oba nga njabire.3Naye waire Tito eyabbaire awamu nanze, eyabbaire Omuyonaani, teyawalirizibwe kukomolebwa: 4naye olw'ab'oluganda ab'obubbeyi abaayingizibwe mu kyama, abaayingire mu kyama okukeeta eidembe lyaisu lye tulina mu Kristo Yesu, okututeeka mu bwidu: 5abo tetwabagondeireku saawa n'eimu okufugibwa ibo; amazima g'enjiri gagumenga gye muli.6Naye abaatenderezebwa okubba abakulu (nga bwe bali ekimu gye ndi; Katonda tasosola mu bantu) abaatenderezeibwe tebannyongeireku kintu: 7naye mu ngeri egendi, bwe baboine nga nagisisiibwe enjiri y'abo abatali bakomole, nga Peetero ey'abakomole 8(kubanga eyakoleire Peetero olw'obutume bw'abakomole niiye yakoleire nzena olw'ab'amawanga);9v9 era bwe baategeire ekisa kye naweweibwe, Yakobo ne Keefa ne Yokaana, abatenderezeibwe okubba empagi, ne batuwa omukono omuliiro ogw'okwikirirya ekimu nze ne Balunabba, ife twabe eri ab'amawanga, ibo baabe eri abakomole; 10kyoka, twijukirenga abaavu; ekyo n'okunyiikira kye nanyiikiriire einu okukikolanga.11Naye Keefa bwe yaizire Antiyokiya, namuwakanyirie nga tubonagana amaiso n'amaiso, kubanga yabbaire mukyamu dala. 12Kubanga oluberyeberye abantu nga bakaali kwiza kuva wa Yakobo, yalyanga n'ab'amawanga: naye bwe baizire, ne yeeyawula n'abaawukanaku, ng'atya abakomole.13Era n'Abayudaaya abandi bonabona ne bakuusiakuusia wamu naye; ne Balunabba n'okuwalulwa n'awalulwa obukuusa bwabwe. 14Naye bwe naboine nga tebaakwata ngira ngolokofu mu mazima g'enjiri, ne nkibera Keefa mu maiso gaabwe bonabona nti Obanga iwe bw'oli Omuyudaaya osengereria empisa gy'ab'amawanga egitali gye Kiyudaaya, owalirizia otya ab'amawanga okusengererianga empisa gy'Ekiyudaaya?15Ife Abayudaaya ab'obuzaaliranwa abatali ba mu b'amawanga abalina ebibbiibi, 16naye tumaite ng'omuntu taweebwa butuukirivu lwa bikolwa bya mateeka wabula olw'okwikiriria Yesu Kristo, era fena twaikiriirye Kristo Yesu, kaisi tuweebwe obutuukirivu olw'okwikirirya Kristo, naye ti lwe bikolwa bya mateeka: kubanga olw'ebikolwa eby'amateeka wabula alina omubiri aliweebwa obutuukirivu.17Naye twatakire okuweebwa obutuukirivu mu Kristo, oba nga twaboneibwe feena okubba n'ebbiibi, kale Kristo muweereza wa kibbiibi? Kitalo. 18Kubanga bwe nzimba ate bye naswire, neeraga nzenka okubba omwonooni. 19Kubanga olw'amateeka nafiire ku mateeka, kaisi mbe omulamu eri Katonda.20Nakomereirwe wamu ne Kristo; naye ndi mulamu; ti ku lwange ate, naye Kristo niiye mulamu mu nze: era obulamu bwe nina atyanu mu mubiri, mbulina lwo kukwikiririya Omwana wa Katonda eyantakire ne yeewaayo ku lwange. 21Tindibya kisa kya Katonda: kubanga obutuukirivu bwe bubba mu mateeka, nga Kristo yafiriire bwereere.
1Imwe Abagalatiya ababula magezi, yani eyabalogere, so nga Yesu Kristo yakomereirwe nga mubona? 2Kino kyonka kye ntaka imwe okuntegeezia nti Mwaweweibwe Omwoyo lwa bikolwa bya mateeka oba lwo kuwulira kwo kwikirirya? 3Mutyo bwe mubula magezi? Abaasookeire mu Mwoyo, atyanu mutuukiririzibwa mu mubiri?4Mwabonyaabonyezeibwe ebyekankana awo bya bwereere? so nga dala ti bwereere. 5Abawa Omwoyo, akola eby'amaani mu imwe, akola lwe bikolwa bya mateeka oba lwo kuwulira kwo kwikirirya?6Nga Ibulayimu bwe yaikirirye Katonda, ne kumubalirwa okubba obutuukirivu. 7Kale mutegeere ng'abemerera mu kwikirirya niibo baana ba Ibulayimu. 8N'ekyawandiikibwa bwe kyaboine eira Katonda bw'aliwa amawanga obutuukirivu olw’okwikirirya, ne kibuulira oluberyeberye Ibulayimu enjiri nti Mu iwe amawanga gonagona mwe galiweerwa omukisa. 9Kityo abemerera mu kwikirirya bawebwa omukisa awamu ne Ibulayimu eyabbaire okwikirirya.10Kubanga bonabona abemerera mu bikolwa by'amateeka, bafugibwa kikolimo: kubanga kyawandiikibwe nti Akolimiirwe buli atabinyiikirira byonabyona ebyawandiikiibwe mu kitabo ky'amateeka, okubikolanga. 11Era kimanyibwe nga mu mateeka wabula aweebwa butuukirivu eri Katonda: kubanga nti Abatuukirivu baabbanga balamu lwo kwikirirya; 12naye amateeka tigemerera mu kwikirirya; naye nti Omuntu agakola yabbanga mulamu mu igo.13Kristo yatununwire mu kikolimo ky'amateeka, bwe yafuukire ekikolimo ku lwaisu: kubanga kyawandiikibwe nti Akolimiirwe buli awanikiibwe ku musaale: 14omukisa gwa Ibulayimu kaisi gutuuke eri amawanga mu Kristo Yesu; kaisi tuweebwe ekyasuubiziibwe eky'Omwoyo olw'okwikirirya.15Ab'oluganda, ntumula mu buntu: endagaano waire nga ya muntu buntu bw'emala okunywera wabula agitoolawo waire agyongeraku. 16Ebyasuubiziibwe byakobeibwe Ibulayimu n'omwizukulu we. Tatumula nti N'eri abaizukulu, nga bangi, naye ng'omumu nti N'eri omuzzukulu we, niiye Kristo.17Kino kye ntumula nti Endagaano eyasookere okunywezebwa Katonda, amateeka agaizire nga wabitirewo emyaka bina mu asatu tegagitoirewo n'okudibya ekyasuubizibwe. 18Kuba oba ng'obusika buva mu mateeka, nga tebuva ate mu kusuubiza: naye Katonda yabuwaire Ibulayimu olw'okusuubizia,19Kale amateeka kiki? Gatekeibwewo lwo kwonoona okutuusia w'aliziira omwizukulu eyasuubiziibwe, galagirwe bamalayika mu mikono gy'omutabaganya. 20Naye omutabaganya ti w'omumu; naye Katonda iye mumu.21Kale amateeka tigatabagana n'ebyasuubiziibwe Katonda? Kitalo: kuba singa amateeka gaaweebwa nga niigo gayinza okuleeta obulamu, dala obutuukirivu bwandibaire mu mateeka. 22Naye ebyawandiikiibwe byasiigiibwe byonabyona mu bufuge bw'ekibbiibi, abaikirirya kaisi baweebwe ekyasuubizibwe ekiva mu kwikirirya Yesu Kristo.23Naye okwikirirya nga kukaali kwiza, twakuumibwanga mu bufuge bwa mateeka, nga tusibibwa olw'okwikirirya okwaba okubikuliwa. 24Kityo amateeka yabbaire mutwali waisu eri Kristo, kaisi tuweebwe obutuukirivu olw'okwikirirya. 25Naye okukkirirya bwe kwamalire okwiza, tetukali mu bufuge bwo mutwali. 26Kubanga imwe mwenamwena muli baana ba Katonda olw'okwikirirya, mu Kristo Yesu.27Kubanga mwenamwena abaabatiziibwe okuyingira mu Kristo, mwavaire Kristo. 28Wabula Muyudaaya, waire Omuyonaani, wabula mwidu waire ow'eidembe, wabula musaiza no mukazi: kubanga imwe mwenamwena muli mumu mu Kristo Yesu. 29Era imwe bwe muli aba Kristo, kale muli izaire lya Ibulayimu, era muli basika ng'okusuubizia bwe kwabbaire.
1Naye ntumula nti omusika ng'akaali mutomuto tomwawula no mwidu n'akatono, waire nga niiye mukama wa byonabyona; 2naye afugibwa abasigire n'abawanika okutuusia ebiseera Itaaye bi yalagire eira.3Tutyo feena, bwe twabbanga abatobato, twabbanga baidu nga tufugibwa eby'oluberyeberye eby'omu nsi: 4naye okutuukirira kw'ebiseera bwe kwatukire, Katonda n'atutumire Omwana we eyazaaliibwe omukali, eyazaaliibwe ng'afugibwa amateeka, 5kaisi abanunule abaafugibwa amateeka, kaisi tuweebwe okufuuka abaana.6Era kubanga muli baana, Katonda yatumwire Omwoyo gw'Omwana we mu myoyo gyaisu; ng'akunga nti Abba, Itawaisu. 7Kityo weena tokaali mwidu, naye mwana; oba ng'oli mwana, era oli musika ku bwa Katonda.8Naye mu naku gidi bwe mutaamanyanga Katonda, mwabbanga baidu ba badi abatali bakatonda mu buwangwa: 9naye atyanu bwe mutegeire Katonda, oba ekisinga bwe mutegereibwe Katonda, mukyuka mutya enyuma mu bigambo eby'oluberyeberye ebibula maani ebinafu, ate bye mutaka okufugibwa omulundi ogw'okubiri?10Mukwata enaku n'emyezi n'ebiseera n'emyaka. 11Mbakeŋŋentererwa okutegana kwange gye muli okubba okw'obwereere.12Mubbe nga nze, kubanga nzena ndi nga imwe, ab'oluganda mbeegayirire. Temunyonoonanga: 13naye mumaite ng'olw'obunafu bw'omubiri nababuulire enjiri omulundi ogw'oluberyeberye: 14era okukemebwa kwanyu okw'omu mubiri gwange temwakunyoomere so temwakulondoire, naye mwangikiriirye nga malayika owa Katonda, nga Kristo Yesu.15Kale okwetenda kwanyu kuli waina? kubanga ndi mujulizi wanyu nti, singa kyabbaire kisoboka, mwanditoiremu amaiso ganyu ne mugawa nze. 16Kale nfukire mulabe wanyu nga mbabuulira amazima?17Beegondia gye muli naye ti kusa; naye kye bataka niikwo kubatakira ewanza, imwe kaisi mwegondienga gye bali: 18Naye kisa abantu okwegondianga mu busa enaku gyonagyona, naye ti niinze lwe mba naimwe lwonka.19Abaana bange abatobato, abanuma ate okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu imwe, 20era nanditakire okubba naimwe atyanu, n'okuwaanyisia eidoboozi lyange, kubanga mbuusiabuusia olw'ebigambo byanyu.21Munkobere imwe abataka okufugibwa amateeka, temuwulira mateeka? 22Kubanga kyawandiikibwe nti Ibulayimu yabbaire na abaana babiri, omumu wa muzaana, omumu weidembe. 23Naye ow'omuzaana yazaaliibwe lwo mubiri; naye ow'eidembe lwo kusuubizia.24Ebyo byo lugero: kubanga Abakali abo niigyo ndagaano eibiri; eimu eva ku lusozi Sinaayi, egendi olw'obwidu, eyo niiye Agali. 25Agali oyo niirwo lusozi Sinaayi, oluli mu Buwalabu, era yekankana ne Yerusaalemi ekya atyanu: kubanga mwidu wamu n'abaana be.26Naye Yerusaalemi eky'omu igulu niikyo ky'eidembe, niiye mawaisu. 27Kubanga kyawandiikiibwe nti Sanyuka, omugumba atazaala; Baguka okutumulira waigulu, atalumwa: Kubanga abaana b'oyo eyalekeibweyo bangi okusinga ab'oyo alina omusaiza:28Naye ife, ab'oluganda, tuli baana ba kusuubiza nga Isaaka bwe yabbaire. 29Naye nga mu biseera bidi eyazaaliibwe olw'omubiri nga bwe yayiganirye eyazaaliibwe olw'Omwoyo, kityo ne atyanu.30Naye ebyawandiikibwa bitumula bitya? nti Bbinga omuzaana n'omwana we: kubanga omwana w’omuzaana talisikira wamu n'omwana ow'eidembe. 31Kale, ab'oluganda, ife tetuli ba muzaana, naye bo we idembe
1Mu idembe Kristo yatufiire be idembe: kale munywere, mulekenga okusibibwa ate mu kikoligo ky'obwidu. 2Bona, nze Pawulo mbakoba nti bwe mukomolebwanga, Kristo talibbaaku ky'alibagasa.3Era ate ntegeeza buli muntu akomolebwa nti alina eibbanja ery'okukolanga eby'amateeka byotuna. 4Mwawuliibwe eri Kristo, imwe abataka okuweebwa obutuukirivu mu mateeka; mugwire okuva mu kisa.5Kubanga ife ku bw'Omwoyo olw'okwikirirya tulindirira eisuubi ery'obutuukirivu. 6Kubanga mu Kristo Yesu okukomolebwa tubula maani waire obutakomolebwa, wabula okwikirirya okukola olw'okutaka. 7Mwabbaire mutambula kusa; yani eyabaziyizirie okugonderanga amazima? 8Okuwemba okwo tekwaviire eri oyo eyabetere.9Ekizimbulukusia ekitono kizimbulukusia ekitole kyonakyona. 10Mbeesiga imwe mu Mukama waisu, nti temulirowooza kigambo kindi: naye oyo abateganya alibbaaku omusango gwe, ne bw'alibba yani.11Naye nze, ab'oluganda, oba nga nkali njigirizia okukomolebwa, kiki ekikaali kinjiganyisia? kale enkonge ey'omusalaba ng'eviirewo. 12Nanditakire badi abababuguutania n'okweyawula beeyawule.13Kubanga imwe, ab'oluganda, mwayeteibwe lwe idembe; naye eidembe lyanyu lirekenga okubbeera omubiri niikwo gwemerera, naye olw'okutaka muweerezeganenga mwenka na mwenka. 14Kubanga amateeka gonagona gatuukirira mu kigambo kimu, mu kino nti Otakanga muntu mwinawo nga bwe weetaka wenka. 15Naye bwe mulumagana, bwe mulyaŋŋana, mwegenderezenga mulekenga okwemalawo mwenka na mwenka.16Naye ntumula nti Mutambulirenga mu Mwoyo, kale temwatuukirizienga kwegomba kwa mubiri. 17Kubanga omubiri gwegomba nga guwakana n'Omwoyo, n'Omwoyo nga guwakana n'omubiri; kubanga ebyo byolekaine, mulekenga okukola ebyo bye mutaka. 18Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, nga temufugibwa mateeka.19Naye ebikolwa by'omubiri byo lwatu, niibyo bino, obwenzi, empitambiibbi, obukaba, 20okusinza ebifaananyi, okuloga; obulabe, okutongana; eiyali; obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu, 21eitima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebiri ng'ebyo: nsooka okubakobera ku ebyo, nga bye nasookere okubakobera, nti badi abakola ebiri ng'ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.22Naye ebibala by'Omwoyo niikwo kutaka, okusanyuka, emirembe, okugumiinkiriza, ekisa, obusa, okwikirirya, 23obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo wabula mateeka. 24N'abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri wamu n'okukwatibwa n'okwegomba kwagwo.25Bwe tuba abalamu ku bw'Omwoyo, era tutambulenga ku bw'Omwoyo. 26Tuleke okwenyumiririzanga obwereere, nga twesunguwalya fenka na fenka, nga tukwatibwa eiyali fenka na fenka.
1Ab'oluganda, omuntu bw'abonebwanga ng'ayonoonere; imwe ab'omwoyo mumulongoosienga ali atyo mu mwoyo gw'obuwombeefu; nga weekuuma wenka wene olekenga okukemebwa. 2Mubbeeraganenga emigugu mwenka na mwenka, mutuukiririenga mutyo eiteeka lya Kristo.3Kubanga omuntu bwe yeerowoozianga okubba ekintu, nga ti kintu, nga yebbeyabbeyanga. 4Naye buli muntu akemenga omulimu gwe ku bubwe; kaisi abbenga n'okwenyumiriza ku bubwe yenka so ti ku bwa gondi. 5Kubanga buli muntu alyetikka omutwalo gwe iye.6Naye ayigirizibwanga ekigambo aikiriryenga ekimu n'oyo ayigiriza mu bisa byonabyona. 7Temubbeyenga; Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonakyona ky'asiga era ky'alikungula. 8Kubanga asigira omubiri gwe iye, alikungula mu mubiri okuvunda; naye asigira Omwoyo, alikungula mu Mwoyo obulamu obutawaawo.9Tuleke okwiririranga mu kukola obusa: kubanga ebiseera bwe birituuka, tulikungula; nga tetuziriire. 10Kale, bwe twabonanga eibbanga, tubakolenga kusa bonabona, naye okusinga abo abali mu nyumba ey'okwikirirya.11Mubone bwe mbawandiikire mu nyukuta enene (emba) n'omukono gwange nze. 12Bonabona abataka okwewoomererya mu mubiri niibo ababawalirizia okukomolebwanga; kyoka balekenga okuyiganyizibwa olw'omusalaba gwa Kristo. 13Kubanga era n'abo beene abakomolebwa amateeka tebagakwata; naye bataka imwe okukomolebwanga, kaisi beenyumiririenga ku mubiri gwanyu.14Naye nze tintaka kwenyumiririanga, wabula ku musalaba gwa Mukama waisu Yesu Kristo; olw'ogwo ensi ekomereire gye ndi, nzena eri ensi. 15Kubanga okukomolebwa ti kintu, waire obutakomolebwa, wabula ekitonde ekiyaaka. 16N'abo bonabona abatambuliranga mu iteeka eryo, emirembe gibenga ku ibo, n'okusaasirwa, ne ku Isiraeri wa Katonda.17Okutandiika atyanu, omuntu yenayena aleke okunteganyanga: kubanga ntwala enkovu gya Yesu gisalibwe ku mubiri gwange. 18Ekisa kya Mukama waisu Yesu Kristo kibeenga wamu n'omwoyo gwanyu, ab'oluganda. Amiina.
1Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okutaka kwa Katonda eri abatukuvu abali mu Efeso n'abaikirirya mu Kristo Yesu: 2ekisa kibbenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Itawaisu ne Mukama waisu Yesu Kristo.3Yeebazibwe Katonda Itaaye wa Mukama waisu Yesu Kristo, eyatuwaire buli mukisa gwonagwona ogw'Omwoyo mu bifo eby'omu igulu mu Kristo: 4nga bwe yatulondera mu iye ng'ensi ekaali kutondebwa, ife okubba abatukuvu ababula kabbiibi mu maaso ge mu kutaka:5bwe yatwawiire eira okumufuukira abaana ku bwa Yesu Kristo, nga bwe yasiimire olw'okutaka kwe, 6ekitiibwa ky'ekisa kye kaisi kitenderezebwenga, kye yatuwaire obuwi mu oyo omutakibwa:7eyatuweeserye akununulibwa kwaisu olw'omusaayi gwe, okusonyiyibwa ebyonoono byaisu, ng'obugaiga obw'ekisa kye bwe buli, 8kye yasukiriirye gye tuli mu magezi gonagona n'okutegeera kwonakwona,9bwe yatutegeezerye ekyama eky'okutaka kwe, nga bwe yasiimire yenka, nga bwe yamaliriire eira mu iye, 10olw'obuwanika obw'omu biseera ebituukirivu, okugaitira awamu byonabyona mu Kristo, ebiri mu igulu n'ebiri ku nsi;11mu oyo feena mwe twafuukiire obusika bwe twayawuliibwe eira mu kumalirira kw'oyo akozia byonabyona nga bw'ataka mu kuteesia kwe; 12ife kaisi tubbe eitendo ly'ekitiibwa kye, ife abaasookere okusuubira mu Kristo:13era mwena mu iye, bwe mwawuliire ekigambo eky'amazima, enjiri ey'obulokozi bwanyu, mu oyo, n'okwikirirya bwe mwaikiriirye, ne muteekebwaku akabonero n'Omwoyo Omutukuvu eyasuubiziibwe, 14niigwo musingo gw'obusika bwaisu, okutuusia envuma ya Katonda lw'erinunulibwa, ekitiibwa kye kitenderezebwe.15Bwe nawuliire okwikirirya Mukama waisu Yesu okuli mu imwe, era kwe mwalagire eri abatukuvu bonabona, 16kyenva tindekangayo kwebalya, nga mbatumulaku mu kusaba kwange;17Katonda wa Mukama waisu Yesu Kristo, Itawaisu ow'ekitiibwa, abawe omwoyo ogw'amagezi n'ogw'okubikuliwa mu kumutegeera iye; 18nga mumulisibwanga amaiso ag'omwoyo gwanyu, imwe okumanya eisuubi ery'okweta kwe bwe liri, obugaiga obw'ekitiibwa eky'obusika bwe mu batukuvu bwe buli,19era obukulu obusinga einu obw'amaani ge eri ife abaikirirya bwe buli, ng'obuyinza bw'amaanyi ge bwe bukola, 20ge yakoza mu Kristo, bwe yamuzuukizirye mu bafu, n'amutyamisia ku mukono gwe omuliiro mu bifo eby'omu igulu, 21waigulu einu okusinga okufuga kwonakwona n'obuyinza n'amaani n'obwami na buli liina eryatulwa ti mu mirembe gino gyonka naye ne mu egyo egyaba okwiza:22n'ateeka byonabyona wansi w'ebigere bye, n'amuteekawo okubba omutwe ku byonabyona eri ekanisa, 23niigwo mubiri gwe, okutuukirira ku oyo atuukiriirya byonabyona mu byonabyona
1Era mwena yabazuukizirye bwe mwabbaire nga mufiiriire mu byonoono n'ebbibi byanyu, 2bye mwatambulirangamu eira ng'emirembe egy'ensi eno bwe giri, okusengereryanga omukulu w'obuyinza obw'omu ibbanga, omwoyo ogukolera atyanu mu baana abatawulira; 3era fena fena be twatambulirangamu eira mu kwegomba kw'omubiri gwaisu, nga tukolanga omubiri n'ebirowoozo bye byebitaka, ne tubbanga olw'obuzaaliranwa abaana b'obusungu, nga n'abandi:4naye Katonda, kubanga niiye mugaiga w'ekisa, olw'okutaka kwe okungi kwe yatutakire ife, 5era ife bwe twabbaire nga tufiiriree mu byonoono byaisu, yatufiire abalamu awamu ne Kristo (mwalokokere lwe kisa), 6n'atuzuukizia wamu naye, n'atutyamisya wamu mu bifo eby'omu igulu mu Kristo Yesu: 7mu mirembe egyaaba okwiza kaisi alage obugaiga obusinga einu obw'ekisa kye mu busa obuli gye tuli mu Kristo Yesu:8kubanga mwalokokere lwe kisa lwo kwikirirya; so tekwaviire gye muli: niikyo ekirabo kya Katonda: 9tikwaviire mu bikolwa, omuntu yenayena aleke okwenyumirizianga. 10Kubanga ife tuli mulimu gwe, abaatondeirwe mu Kristo Yesu olw'ebikolwa ebisa, Katonda bye yasookere okuteekateeka ife okubitambulirangamu.11Kale mwijukire ng'eira imwe, ababbaire ab'amawanga mu mubiri, Abakomole be bayetere Abataakomoleibwe, mu mubiri okukolebwa n'emikono; 12nga mu biseera bidi mwabbaire nga muli wala ne Kristo, mwabbaire nga mubooleibwe mu kika kya Isiraeri, era mwabbaire banaigwanga eri endagaano egy'okusuubiza, nga mubula kusuubira, nga mubula Katonda mu nsi.13Naye atyanu mu Kristo Yesu imwe abaali ewala eira musembezeibwe olw'omusaayi gwa Kristo. 14Kubanga iye niigyo emirembe gyaisu, eyafiire byombiri ekimu, n'amenyawo ekisenge ekya wakati ekyawula, 15bwe yamalire okutoolawo mu mubiri gwe obulabe, tawuleti ey'ebiragiro ebiri mu mateeka; kaisi atonde mu iye mweene abo bombiri okubba omuntu omumu omuyaaka, okuleeta emirembe; 16era kaisi atabaganye bombiri eri Katonda mu mubiri gumu olw'omusalaba, bwe yaitiire obulabe ku igwo:17n'aiza n'ababuulira enjiri ey'emirembe imwe ababbaire wala, n'emirembe ababbaire okumpi: 18kubanga ku bw'oyo ife fembiri tulina okusembera kwaisu eri Itawaisu mu Mwoyo omumu.19Kale mutyo temukaali banaigwanga na batambula, naye muli be kika kimu n'abatukuvu, era bo mu nyumba ya Katonda, 20kubanga mwazimbiibwe ku musingi niibo batume na banabi, Kristo Yesu mweene bw'ali eibbaale einene ery'oku nsonda; 21mu oyo buli nyumba yonayona, bw'egaitibwa okusa, ekula okubbanga yeekaalu entukuvu mu Mukama waisu; 22mu oyo era mwena muzimbibwa wamu okubbanga ekisulo kya Katonda mu Mwoyo.
1Kale nze Pawulo, omusibe wa Yesu Kristo ku lwanyu ab'amawanga, - 2oba mwawuliire obuwanika obw'ekisa kya Katonda kye naweweibwe eri imwe;3bwe nategeezeibwe ekyama mu kubikkuliwa, nga bwe nawandikire eira mu bigambo ebitono, 4ebiyinza okubategeeza, bwe mubisoma, okumanya kwange mu kyama kya Kristo; 5ekitaategeezebwa mu mirembe egy'eira abaana b'abantu, nga atyanu bwe kibikkuliibwe abatume be abatukuvu ne banabi mu Mwoyo;6ab'amawanga okubba abasikira awamu, era ab'omubiri ogumu, era abaikirirya ekimu ekyasuubizibwe mu Kristo Yesu olw'enjiri, 7gye nafuukiire omuweereza waayo, ng'ekirabo eky'ekisa kya Katonda bwe kiri kye naweweibwe ng'okukola kw'amaani ge bwe kuli.8Nze, omutomuto okusinga abatobato ab'omu batukuvu bonabona, naweweibwe ekisa kino, okubuuliranga ab’amawanga obugaiga bwa Kristo obutasagirikika; 9n'okumulikiryanga bonabona babone okugaba kw'ekyama bwe kuli, ekyagisiibwe okuva eira n'eira lyonalyona mu Katonda eyatondere byonabyona;10atyanu abaamasaza n'ab'obuyinza mu bifo eby'omu igulu bategeezebwe mu kanisa amagezi amangi aga Katonda ag'engeri enyingi, 11ng'okumalirira bwe kuli mu Kristo Yesu Mukama waisu:12mwe tutoola obuvumu bwaisu n'okusembera n'obugumu olw'okumwikirirya iye. 13Kyenva nsaba imwe mulekenga okwiririra olw'ebibonoobono byange ku lwanyu, ebyo niikyo ekitiibwa kyanyu14Kyenva nfukaamirira Itawaisu, 15buli kika eky'omu igulu n'eky'oku nsi kwe bitoola eriina, 16abawe imwe, ng'obugaiga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaani mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda:17Kristo atyamenga mu myoyo g'yanyu olw'kwikirirya; mubbenga n'emmizi munywezebwenga mu kutaka, 18kaisi muweebwe amaani okukwatanga n'amagezi awamu n'abatukuvu bonabona obugazi n'obuwanvu n'obugulumivu n'okwaaba wansi bwe biri, 19n’okutegeera okutaka kwa Kristo okusinga okutegeerwa, kaisi mutuukirire okutuusia okutuukirira kwonakwona okwa Katonda.20Kale oyo ayinza okukola einu okusingira kimu byonabyona bye tusaba oba bye tulowooza, ng'amaani bwe gali agakolera mu ife, 21aweebwenga ekitiibwa mu kanisa ne mu Kristo Yesu okutuusia emirembe n'emirembe egitawaawo. Amiina.
1Kyenva mbeegayirira nze omusibe mu Mukama waisu okutambulanga nga bwe kusaanira okwetebwa kwe mwayeteyibwe, 2n'obwikaikamu bwonabwona n'obuwombeefu, n'okugumiikirizia, nga muzibiikirizagananga mu kutakagananga, 3nga munyiikiranga okwekuuma obumu bw'Omwoyo mu kusibibwa n'emirembe.4Omubiri guli gumu, n'Omwoyo mumu, era nga mwena bwe mwayeteibwe mu kusuubira okumu okw'okwetebwa kwanyu; 5Mukama waisu mumu, okwikirirya kumu, okubatiza kumu, 6Katonda mumu, Itaaye wa bonabona, afuga byonabyona, abita mu byonabyona, era ali mu byonabyona.7Naye buli muntu mu ife yaweweibwe ekisa ng'ekigera ky'ekirabo kya Kristo bwe kiri. 8Kyava atumula nti Bwe yaninire waigulu, n'anyaga okunyaga, N'awa abantu ebirabo.9(Naye ekigambo ekyo nti Yaninire, kikoba ki wabula okukoba nti era yaikire mu njuyi egya wansi egy'ensi? 10Eyaikire era niiye oyo eyaniniire waigulu einu okusinga eigulu lyonalyona, kaisi atuukirirye byonabyona.)11Era oyo n'awa abandi okubba abatume, n'abandi banabbi, n'abandi ababuulizi, n'abandi abalunda n'abayigirizia; 12olw'okutuukirirya abatukuvu, olw'omulimu ogw'okuweerezia, olw'okuzimba omubiri gwa Kristo: 13okutuusia lwe tulituuka fenafena mu bumu obw'okwikiriria, n'obw'okutegeera Omwana wa Katonda, lwe tulituuka okubba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky'obukulu obw'okutuukirira kwa Kristo:14tulekenga okubba ate abaana abatobato, nga tuyuugayuuga nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigirizia, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okusengererya okuteesia okw'obubbeyi; 15naye, bwe tutumulanga amazima mu kutakagananga, kaisi tukule okutuuka mu iye mu byonabyona, niigwo mutwe, Kristo; 16mu oyo omubiri gwonagwona bwe gugaitibwa okusa ne gunywezebwa awamu buli nyingo ng'ereeta ebyayo, ng'okukola mu kigera okwa buli kitundu bwe kuli, omubiri gweyongera okukula olw'okwezimba mu kutakagananga.17Kyenva ntumula kino ne ntegeezia mu Mukama waisu, imwe mulekenga okutambula ate, era ng'ab'amawanga bwe batambula mu birowoozo byabwe ebibulamu, 18nga bazikizibwa amagezi gaabwe, nga baawulibwa ku bulamu bwa Katonda olw'obutategeera obuli mu ibo, olw'okukakanyala okw'omwoyo gwabwe; 19kubanga beerabira okulumwa, ne beewaayo mu bwenzi, okukolanga eby'obugwagwa bwonabwona mu kwegomba.20Naye imwe temwayegere mutyo Kristo; 21oba nga mwamuwuliire, ne muyigirizibwa mu iye ng'amazima bwe gali mu Yesu: 22mu bigambo by'empisa egy'oluberyeberye, imwe okwambula omuntu ow'eira, avunda olw'okwegomba okw'obubbeyi;23era okufuuka abuyaaka mu mwoyo ogw'ebirowoozo byanyu, 24okuvaala omuntu omuyaaka, eyatondeibwe mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw'amazima.25Kale mwambule obubbeyi, mutumulenga amazima buli muntu ni mwinaye: kubanga tuli bitundu bya banaisu fenka na fenka. 26Musunguwalenga so temwonoonanga: eisana lirekenga okugwa ku busungu bwanyu: 27so temuwanga ibbanga Setaani.28Eyaibbanga alemenga okwibba ate: naye waakiri afubenga, ng'akola ebisa n'emikono gye, kaisi abbenga n'eky'okumuwa eyeetaaga. 29Buli kigambo ekivundu kireke okuvanga mu munwa gwanyu, naye ekisa bwe kyabbangawo olw'okuzimba nga omuntu bwe yeetaaga, abawulira kibawenga ekisa. 30So temunakuwalyanga Mwoyo Mutukuvu owa Katonda, eyabateekeseryeku akabonero okutuusia olunaku olw'okununulibwa.31Okukaawa kwonakwona n'obusungu n'obukambwe n'okukaayana 32era mubbenga n'obusa mwenka na mwenka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga katonda bwe yabasonyiwire mi kristo.
1Kale musengereryenga Katonda, ng'abaana abatakibwa; 2era mutambulirenga mu kutaka, era nga Kristo bwe yabatakire imwe, ne yeewaayo ku lwaisu okubba ekirabo era saddaaka eri Katonda okubba eivumbe eriwunya okusa.3Naye obwenzi n'obugwagwa bwonabwona n'okwegomba n'okutumulibwangaku tebitumulibwangaku mu imwe, nga bwe kigwanira abatukuvu 4Waire eby'ensoni, waire ebirogyebwa eby'obusiru, waire okubalaata, ebitasaana: naye wakiri okwebalyanga.5Kubanga ekyo mukitegeerera kimu nga wabula mwenzi, oba mugwagwa, oba eyeegomba, niiye oyo asinza ebifaananyi, alina obusika mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. 6Omuntu yenayena tababbeyanga n'ebigambo ebibulamu: kubanga olw'ebyo obusungu bwa Katonda bwiza ku baana abatawulira. 7Kale temwikiriryanga kimu nabo;8kubanga eira mwabbaire ndikirirya, naye atyanu muli musana mu Mukama waisu: mutambulenga ng'abaana b'omusana 9(kubanga ebibala by'omusana biri mu busa bwonabwona n'obutuukirivu n'amazima), 10nga mukeberanga Mukama waisu ky'ataka bwe kiri; 11so temwikiriryanga kimu n'ebikolwa ebitabala eby'endikirirya, naye wakiri mubibuulirirenga bubuulirizi; 12kubanga kye nsoni n'okubitumulaku ebyo bye bakola mu kyama.13Naye ebigambo byonabyona, bwe bibuulirirwa, omusana gubibonesia: kubanga buli ekibonesebwa niigwo musana. 14Kyava atumulisia nti Zuuka, iwe agonere, ozuukire mu bafu, Kristo yakwakira.15Kale mumoge inu bwe mutambulanga, ti ng'ababula magezi, naye ng'abalina amagezi; 16nga mweguliranga eibbanga, kubanga enaku gino mbibbi. 17Kale temubbanga basirusiru, naye mutegeerenga Mukama waisu ky'ataka bwe kiri.18So temutamiiranga mwenge, kubanga mu gwo mulimu okwegayaigula, naye mwizulenga Omwoyo; 19nga mutumulagananga mu zabbuli n'enyembo n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga mwembanga, nga mumukubbiranga enanga mu myoyo gwanyu Mukama waisu; 20nga mwebalyanga enaku gyonagyona olwa byonabyona Katonda Itawaisu mu liina lya Mukama waisu Yesu Kristo; 21nga muwuliragananga mu kutya Kristo.22Abakali, muwulirenga baibawanyu, nga bwe muwulira Mukama waisu. 23Kubanga omusaiza niigwo mutwe gwo mukali we, era nga Kristo bw'ali omutwe gw'ekanisa, bw'ali omulokozi ow'omubiri mwene. 24Naye ng'ekanisa bw'ewulira Kristo, n'abakazi batyo bawulirenga baibawabwe mu buli kigambo.25Abasaiza, mutakenga bakali banyu, era nga Kristo bwe yatakire ekanisa, ne yeewaayo ku lwayo; 26kaisi agitukulye ng'amalire okugirongoosia n'okuginaabya n'amaizi mu kigambo, 27kaisi agyereetere mwene ekanisa ey'ekitiibwa, nga ebula ibala waire olufunyiro waire kyonakyona ekifaanana nga bino; naye ebbe entukuvu ebulaku buleme.28Era bwe kibagwaniire kityo abasaiza okutakanga bakali baabwe beene ng'emibiri gyabwe beene. Ataka mukali we mwene, yetaka yenka: 29kubanga wabula muntu eyabbaire akyawire omubiri gwe mweene, naye aguliisia, agujanjaba, era nga Kristo bw'ajanjaba ekanisa; 30kubanga tuli bitundu byo mubiri gwe.31Omuntu kyeyavaaga aleka itaaye ne maaye ne yeegaita no mukali we; boona bombiri baabbanga omubiri gumu. 32Ekyama kino kikulu: naye ntumula ku Kristo n'ekanisa. 33Naye era mwena buli muntu atakenga mukali we nga bwe yetaka yenka; n'omukali atyenga ibaaye.
1Abaana abatobato, muwulirenga abazaire baanyu mu Mukama waisu: kubanga kino niikyo ekisa. 2Oteekangamu ekitiibwa itaawo ne maawo (niilyo eiteeka ery'oluberyeberye eririmu okusuubiza) 3kaisi obbenga kusa, era owangaalenga enaku nyingi ku nsi.4mwena, baitawaabwe, temusunguwalyanga baana baanyu: naye mubalerenga mu kukangavulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waisu.5Abaidu, muwulirenga bakama baanyu ab'omubiri nga mulina okutya n'okutengera, omwoyo gwanyu nga gubulamu bukuusa, nga Kristo; 6ti nga mu kuweereza okw'okungulu, ng'abaandi okusiimibwanga abantu; naye ng'abaidu ba Kristo, nga mukolanga n'omwoyo, Katonda by'ataka, 7nga muweerezanga n'okutaka nga Mukama waisu so ti bantu: 8nga mumaite nti buli muntu ekisa ky'akola, ky'aliweebwa ate eri Mukama waisu, oba mwidu oba w'eidembe.9mwena, bakama baabwe, mubakolenga mutyo, nga mulekanga okutiisia: nga mumaite nga Mukama waabwe era owanyu ali mu igulu, so wabula kusosola mu bantu gy'ali.10Eky'enkomerero, mubbenga n'amaani mu Mukama waisu ne mu buyinza obw'amaani ge. 11Muvaalenga ebyokulwanisia byonabyona ebya Katonda, kaisi musobolenga okwemerera eri enkwe gya Setaani.12Kubanga tetukubbagana na musaayi na mubiri, naye n'abaamasaza, n'ab'obuyinza, n'abafuga ensi ab'omu ndikirirya eno, n'emyoyo egy'obubbiibi mu bifo ebya waigulu. 13Kale mutwalenga ebyokulwanisia byonabyona ebya Katonda, kaisi muyinzenga okuguma ku lunaku olubbiibi, era bwe mulimala okukola byonabyona, musobole okwemerera.14Kale mwemererenga, nga mwesibire mu nkeende gyanyu amazima, era nga muvaire eky'omu kifubba obutuukirivu, 15era nga munaanikire mu bigere okweteekateeka okw'enjiri ey'emirembe; 16era ku ebyo byonabyona nga mukwatiireku engabo ey'okwikirirya, eyabasobozesianga okuzikizia obusaale bwonabwona obw'omusio obw'omubbiibi.17Muweebwe ne sepewo ey'obulokozi, n'ekitala eky'Omwoyo, niikyo kigambo kya Katonda: 18nga musabanga buli kiseera mu Mwoyo n'okusaba n’okwegayiriranga kwonakwona mu kunyiikiranga kwonakwona n’okwegayiririranga abatukuvu bonabona,19era nzeena kaisi mpeebwe okutumulanga okwasamyanga omunwa gwange, okutegeezanga n'obuvumu ekyama eky'enjiri, 20gye mbeerera omubaka waayo mu lujegere; ntumulenga n'obuvumu mu iyo, nga bwe kiŋŋwanira okutumulanga.21Naye mwena kaisi mutegeere ebifa gye ndi bwe biri, Tukiko, ow'oluganda omutakibwa era omuweereza omwesigwa mu Mukama waisu alibategeeza byonabyona:22gwe mbatumiire olw'ensonga eno, kaisi mutegeere ebifa gye tuli, era abasanyusie emyoyo gyanyu.23Emirembe gibbenga eri ab'oluganda, n'okutaka awamu n'okwikiriria ebiva eri Katonda Itwaisu ne Mukama waisu Yesu Kristo. 24Ekisa kibbenga n'abo bonabona abataka Mukama waisu Yesu Kristo mu butamala.
1Pawulo ne Timoseewo, abaidu ba Kristo Yesu, eri abatukuvu bonabona mu Kristo Yesu abali mu Firipi, wamu n'abalabirizi n'abaweereza: 2ekisa kibbenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Itwaisu ne Mukama waisu Yesu Kristo3Nebalya Katonda wange buli lwe mbaijukira, 4enaku gy'onagyona buli lwe mbasabira mwenamwena nsaba n'eisanyu, 5olw'okwikiria ekimu kwanyu olwokubunyisia enjiri okuva ku lunaku olw'oluberyeberye okutuusia atyanu; 6nga ntegeereire kimu kino ng'oyo eyatandikire omulimu omusa mu imwe aligutuukiriria okutuusia ku lunaku lwa Yesu Kristo:7nga bwe kiri ekisa nze okulowoozanga ekyo gye muli mwenamwena, kubanga ndi naimwe mu mwoyo gwange, bwe mwikirirya ekimu mwenamwena awamu nanze mu kisa, mu kusibibwa kwange era ne mu kuwozererianga enjiri n'okuginywezianga. 8Kubanga Katonda iye mujulirwa wange, bwe mbalumirirwa omwoyo mwenamwena mu kusaasira kwa Kristo Yesu.9Era kino kye nsaba okutaka kwanyu kweyongereyongerenga kwisukirirenga mu kutegeera n'okwawula kwonakwona: 10kaisi musiimenga ebisinga obusa; mubbenga ababula bukuusa era ababula kabbiibi okutuusia ku lunaku lwa Kristo; 11nga mwizwiire ebibala eby'obutuukirivu, ebiriwo ku bwa Yesu Kristo, Katonda aweebwe ekitiibwa, atenderezebwe.12Naye ntaka imwe okutegeera, ab'oluganda, ng'ebyambaireku byaizire lwo kubunyisia bubunyisi enjiri; 13n'okusibibwa kwange kaisi ne kuboneka mu Kristo eri basirikale bonabona aba kabaka, n'abandi bonabona; 14n'ab'oluganda abasinga obusa mu Mukama waisu kaisi ne baguma olw'okusibibwa kwange ne beeyongeranga inu okwaŋŋanga okubuuliranga ekigambo kya Katonda nga tebatya.15Abandi babuulira Kristo lw'eiyali n'okutongana; era n'abadi bamubuulira lwe kisa: 16bano babuulira lwo kutaka, nga bamaite nga nateekeibwewo lwo kuwozererianga enjiri: 17naye badi babulira Kristo olw'okutongana, ti mu mazima, nga balowooza okundeetera enaku mu kusibibwa kwange.18Naye ekyo kyoona nsonga? wabula nga mu ngeri gyonagyona, oba mu bukuusa oba mu mazima, Kristo abuulirwa; n'ekyo nkisanyukiire, niiwo awo era ndisanyuka. 19Kubanga maite ng'ekyo kirinviiramu obulokozi olw'okusaba kwayu n'okuweebwa Omwoyo wa Yesu Kristo,20nga bwe ningirira einu ne nsuubira nga tindikwatibwa nsoni mu kigambo kyonakyona, wabula nga Kristo, enaku gyonagyona, era ne atyanu yagulumizibwanga mu mubiri gwange mu buvumu bwonabwona, oba mu bulamu oba mu kufa. 21Kubanga gye ndi okubba omulamu niiye Kristo, n'okufa niigo magoba.22Naye oba ng'okubba omulamu mu mubiri, okwo nga niikyo ekibala eky'omulimu gwange, kale tiimaite kye neerondera. 23Naye nemesebwa enjuyi gyombiri, nga neegomba okwaaba okubba ne Kristo; kubanga niikwo kusinga einu dala: 24naye okubba mu mubiri niikwo kusinga okwetaagibwa ku lwanyu.25Era, kubanga ntegeereire kimu ntyo, maite nga ndibba, era ndibba wamu naimwe mwenamwena, olw'okubitirira kwanyu n'okusanyuka olw'okwikiriria: 26okwenyumirizia kwanyu kaisi kusukirire mu Kristo Yesu ku bwange, nze olw'okwiza gye muli kabite. 27Naye kyooka okutambula kwanyu kubbenga nga bwe kigwanira enjiri ya Kristo: bwe ndiiza okubabonaku oba nga tindiwo, kaisi mpulire ebifa gye muli, nga mugumire mu mwoyo gumu, nga mulwaniriranga okwikiriria okw'enjiri n’emeeme imu;28so nga temukangibwa balabe mu kigambo kyonakyona: niiko kabonero dala gye bali ak'okuzikirira, naye eri imwe k'obulokozi, era obuva eri Katonda; 29kubanga mwaweweibwe ku lwa Kristo ti kumwikirirya kwonka, era naye n'okubonaabonanga ku lulwe: 30nga mulina okulwana kudi kwe mwaboine gye ndi, era kwe muwulira atyanu okuli gye ndi.
1Kale oba nga waliwo okukubbagiza kwonakwona mu Kristo, oba ng'okusanyusa kwonakwona okw'okutaka, oba ng'okwikiriria ekimu kwonakwona okw'Omwoyo, oba ng'okusaasira n'ekisa, 2mutuukiririe eisanyu lyange mulowoozenga bumu, nga mulina okutaka kumu, omwoyo mumu nga mulowooza bumu;3temukolanga kintu kyonakyona olw'okutongana waire olw'ekitiibwa ekibulamu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizienga mwinaye okusinga bwe yeegulumizia yenka; 4temulingiriranga buli muntu ebibyo wenka, era naye buli muntu n'eby'abandi5Imwe mubbengamu okulowooza kudi, era okwabbaire mu Kristo Yesu; 6oyo bwe yasookere, okubba mu kifaananyi kya Katonda, tiyalowoozere kintu ekyegombebwa okwekankana ne Katonda, 7naye yetoireku ekitiibwa, bwe yatwaire engeri y'omwidu, n'abba mu kifaananyi ky'abantu; 8era bwe yabonekeire mu mutindo ogw'obuntu, ne yeetoowazia, nga muwulizie okutuusia okufa, era okufa okw'oku musalaba.9Era Katonda kyeyaviire amugulumizia einu n'amuwa eriina lidi erisinga amaina gonagona; 10buli ikumbo lifukaamirirenga eriina lya Yesu, ery'eby'omu igulu n'eby'oku nsi n'ebya wansi w'ensi, 11era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo niiye Mukama waisu, Katonda Itawaisu aweebwe ekitiibwa.12Kale, abatakibwa bange, nga bwe mwawuliranga enaku gyonagyona, ti nga nze lwe mbaawo lwonka, naye atyanu okusinga einu nga mbulayo, mutuukirizienga obulokozi bwanyu beene n'okutya n'okutengera; 13kubanga Katonda niiye akozia mu imwe okutaka n'okukola, olw'okusiima kwe okusa.14Mukolenga byonabyona awabula kwemulugunyanga n'empaka; 15mulekenga okubbaaku kye munenyezebwa waire eitima, abaana ba Katonda ababula mabala wakati w'emirembe egyakyamire emikakanyavu, gye mubonekeramu ng'etabaaza gy'omu nsi, 16nga mwolesia ekigambo eky'obulamu; kaisi mbe n'okwenyumirizia ku lunaku lwa Kristo, kubanga tinapyatiire bwereere, so tinafubiire bwereere.17Naye waire nga nfukibwa ku sadaaka n'okuweereza okw'okwikirirya kwanyu, nsanyukire era nsanyukira wamu naimwe mwenamwena: 18era mwena mutyo musanyuke era musanyukire wamu nanze.19Naye nsuubira mu Mukama waisu Yesu, okubatumira amangu Timoseewo, nzena kaisi ngume omwoyo, bwe ndimala okutegeera ebifa gye muli. 20Kubanga mbula muntu gondi alina emeeme eyekankana n'ey'oyo, aligenderera ebyanyu mu mazima. 21Kubanga ibo bonabona beesagirira byabwe ku bwabwe, ti bya Yesu Kristo.22Naye ekimutegeezesia mukimaite, nga aweerezanga wamu nanze olw'enjiri, ng'omwana eri Itaaye. 23Kale oyo nsuubira okumutuma amangu, kyoka bwe ndimala okubona ebifa gye ndi: 24naye nsuubira mu Mukama waisu nti nzena ndiiza mangu.25Naye naboine nga kigwaniire okubatumira Epafulodito muganda wange, era mukozi munange, era mulwani munange, naye iye mutume wanyu era omuweereza w'ebintu bye neetaaga; 26kubanga yabalumiirwe omwoyo imwe mwenamwena, ne yeeraliikirira inu, kubanga mwawuliire nga yalwaire 27kubanga okulwala yalwaire yabbaire kumpi n'okufa: naye Katonda yamusaasiire; so ti niiye yenka, naye era nanze, enaku egindi gireke okweyongera ku naku gye nina.28Kyenva ntaka einu okumutuma, bwe mulimubona ate kaisi musanyuke, nanze nkendeezie ku kunakuwala kwange. 29Kale mumwanirizanga mu Mukama waisu n'eisanyu lyonalyona; era abafaanana oyo mubateekengamu ekitiibwa: 30kubanga yatugotereku katono afe olw'omulimu gwa Kristo, bwe yasingirewo obulamu bwe kaisi atuukirizie ekyagotereku mu kuweereza kwanyu gye ndi.
1Ebisigaireyo, bagande bange, musanyukirenga Mukama waisu. Okubawandiikira ebimu tekunkonya nze, naye kuleeta mirembe gye muli. 2Mwekuumenga embwa, mwekuumenga abakozi ababbiibi, mwekuumenga abeesala: 3kubanga ife tuli abeekomola, abasinza ku bw'Omwoyo gwa Katonda, abeenyumiririzia mu Kristo Yesu, era abateesiga mubiri:4newaire nga nze nyinza n'okwesiga omubiri: omuntu ogondi yenayena bw'alowooza okwesiga omubiri, nze musinga: 5nze eyakomolereirwe ku lunaku olw'omunaana, ow'omu igwanga lya Isiraeri, ow'omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya dala; mu mateeka Mufalisaayo;6mu kunyiikira, nga njiganya ekanisa; mu butuukirivu obuli mu mateeka, nabonekanga nga mbulaku kyo kunenyezebwa. 7Naye byonabyona ebyabbaire amagoba gye ndi, ebyo nabirowoozerye nga kufiirwa olwa Kristo.8Naye era n'ebintu byonabyona nabirowoozerye nga kufiirwa olw'obusa obungi obw'okutegeera Kristo Yesu Mukama wange: ku bw'oyo nafiirirwe ebintu byonabyona, era mbirowooza okubba mpitambibbi, kaisi nfune amagoba niiye Kristo, 9era kaisi mbonekere mu iye, nga mbula butuukirivu bwange obuva mu mateeka, wabula obutuukirivu obuliwo olw'okwikirirya Kristo, obuva eri Katonda mu kwikirirya: 10kaisi mutegeere iye n'obuyinza obw'okuzuukira kwe n'okwikirirya ekimu okw'ebibonoobono bye, nga mufaanana ne mu kufa kwe; 11bwe ndiyinzia mu byonabyona okutuuka ku kuzuukira kwe okuva mu bafu.12Ti kukoba nti malire okuweebwa oba nti makire okutuukirizibwa: naye nsengererya era kaisi nkikwate ekyo kye yankwatiire Kristo Yesu. 13Ab'oluganda, tinerowooza nze nga malire okukwata: naye kimu kye nkola, nga neerabira ebyo ebiri enyuma, era nga nkununkirizia ebyo ebiri mu maiso, 14nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey'okubita kwa Katonda okwa waigulu mu Kristo Yesu.15Kale ife fenafena abatuukiririre, tulowoozenga ekyo: era bwe mulowooza ebindi mu kigambo kyonakyona, era Katonda alibabikulira n’ekyo: 16naye kyoka, kye tutuukireku, tutambulirenga mu ekyo.17Ab'oluganda, mwikiriziganye wamu musengererienga, era mubonerenga ku abo abatambula nga bwe mulina ife okubba ekyokuboneraku. 18Kubanga bangi abatambula be nabakobeireku emirundi emingi, ne atyanu mbakobera nga nkunga amaliga, nga niibo balabe ab'omusalaba gwa Kristo: 19enkomerero yaabwe niikwo kuzikirira, katonda waabwe niikyo ekida, era ekitiibwa kyabwe kiri mu nsoni gyabwe, balowooza byo mu nsi.20Kubanga ife ewaisu mu igulu; era gye tulindiririra Omulokozi okuvaayo, Mukama waisu Yesu Kristo: 21aliwaanyisia omubiri ogw'okutoowazibwa kwaisu okufaananyizibwa ng'omubiri ogw'ekitiibwa kye, ng'okukola okwo bwe kuli okumuyinzisia n'okwikiriria ebintu byonabyona wansi we.
1Kale, bagande bange abatakibwa be numirwa omwoyo, eisanyu lyange era engule yange, mwemererenga mutyo okunywerera mu Mukama waisu, abatakibwa. 2Mbuulirira Ewodiya, era mbuulirira Suntuke, balowoozenga bumu mu Mukama waisu. 3Ate era weena, mwidu munange dala dala, nkwegayirire obbenga abakali abo, kubanga baakolanga emirimu wamu nanze mu njiri, era ne Kulementi, n’abandi bakozi banange, amaina gaabwe gali mu kitabo ky'obulamu.4Musanyukirenga Mukama waisu enaku gyonagyona: ate ntumula nti Musanyukenga. 5Okuzibiikirizia kwanyu kumanyibwenga abantu bonabona. Mukama waisu ali kumpi. 6Temweraliikiriranga kigambo kyonakyona; naye mu kigambo kyonakyona mu kusabanga n'okwegayiriranga awamu n'okwebalyanga bye mutaka bitegeezebwenga eri Katonda. 7N'emirembe gya Katonda, egisinga okutegeerwa kwonakwona, gyakuumanga emyoyo gyanyu n'ebirowoozo byanyu mu Kristo Yesu.8Ebisigaireyo, ab'oluganda, eby'amazima byonabyona, ebisaanira ekitiibwa byonabyona, eby'obutuukirivu byonabyona, ebirongoofu byonabyona, ebitakibwa byonabyona, ebisiimibwa byonabyona; oba nga waliwo obusa, era oba nga waliwo eitendo, ebyo mubirowoozenga. 9Bye mwayegere era ne muweebwa ne muwulira ne mubona gye ndi, ebyo mubikolenga: ne Katonda ow'emirembe yabbanga naimwe.10Naye nsanyukiire inu Mukama waisu kubanga atyanu kye mwize musibuke okulowooza ebyange; naye ekyo okulowooza mwakirowoozanga, naye temwabbaire ne ibbanga. 11Ti kubanga ntumula olw'okwetaaga: kubanga nayegere, embeera gye mbaamu yonayona, obutabbaku kye neetaaga. 12Maite okwetoowaza, era maite bwe kiba okuba n'ebintu ebingi: mu buli kigambo ne mu bigambo byonabyona nayegere ekyama ekiri mu kwikuta ne mu kulumwa enjala, okubba n'ebingi era n'okuba mu bwetaavu. 13Nyinzirye byonabyona mu oyo ampa amaani.14Naye mwakolere kusa okwikiriria ekimu n'ebibonoobono byange. 15Era imwe, Abafiripi, mumaite nga mu kusooka kw'enjiri, bwe naviire mu Makedoni, nga wabula kanisa eyaikirirye ekimu nanze mu kigambo eky'okugaba n'okuweebwa, wabula imwe mwenka; 16kubanga era ne mu Ssesaloniika mwaweerezerie omulundi gumu, era n'ogw'okubiri, olw'okwetaaga kwange. 17Ti kubanga nsagira kirabo; naye nsagira bibala ebyeyongera ku muwendo gwanyu.18Naye nina ebintu byonabyona, ne nsukirira: ngikutire, bwe namala okuweebwa Epafulodito ebyaviire gye muli, eivumbe eriwunya okusa, saddaaka eikirizibwa, esiimibwa Katonda. 19Era Katonda wange yatuukirizianga buli kye mwetaaga, ng'obugaiga bwe bwe buli mu kitiibwa mu Kristo Yesu. 20Era Katonda era Itawaisu aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina21Musugirie buli mutukuvu mu Kristo Yesu. Ab'oluganda abali nanze babasugiirye. 22Abatukuvu bonabona babasugirye, naye okusinga ab'omu nyumba ya Kayisaali. 23Ekisa kya Mukama waisu Yesu Kristo kibbenga n'omwoyo gwanyu.
1Pawulo omutume wa Kristo Yesu olw'okutaka kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda, 2era abatukuvu, ab'oluganda abeesigwa mu Kristo ab'omu Kolosaayi: ekisa kibbenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Itawaisu. 3Twebalya Katonda Itaye wa Mukama waisu Yesu Kristo, nga tubasabira enaku gyonagyona,4bwe twawulire okwikiriria kwanyu mu Kristo Yesu, n'okutaka kwe mulina eri abatukuvu bonabona, 5olw'eisuubi eryagisibwe mu igulu, lye mwawulire eira mu kigambo eky'amazima ag'enjiri, 6eyaizire gye muli; era nga bw'eri mu nsi gyonagyona, ng'ebala ebibala era ng'ekula, era nga ne mu imwe, okuva ku lunaku bwe mwawulire ne mutegeera ekisa kya7Katonda mu mazima; nga bwe mwayigiriziibwe Epafula omwidu munaisu omutakibwa, niiye muweereza omwesigwa owa Kristo ku lwaisu, 8era eyatukobeire okutaka kwanyu mu Mwoyo.9Feena kyetuva tetulekaayo, okuva ku lunaku bwe twawulire, okubasabira n'okubeegayirira kaisi mwizulibwe okutegeeranga by'ataka mu magezi gonagona n'okutegeera eby'Omwoyo, 10okutambulanga nga bwe kisaanira Mukama waisu olw'okusiimibwa kwonakwona, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekisa, era nga mukuliranga mu kutegeera Katonda;11nga muyinzisibwanga n'obuyinza bwonabwona, ng'amaani ag'ekitiibwa kye bwe gali, olw'okugumiikiriza kwonakwona n'okuzibiikiriza awamu n'okusanyuka; 12nga mwebalya Itawaisu, eyatusaanyizirye ife omugabo ogw'obusika obw'abatukuvu mu musana,13eyatulokoire mu buyinza obw'endikiriria, n'atutwala mu bwakabaka obw'Omwana we omutakibwa; 14imwe tubbenga n'okununulwa, niikwo kusonyiyibwa kw'ebbiibi byaisu:15oyo niikyo ekifaananyi kya Katonda ataboneka, omuberyeberye ow'ebitonde byonabyona; 16kubanga mu oyo ebintu byonabyona mwe byatondeirwe, mu igulu ne ku nsi, ebiboneka n'ebitaboneka, oba nga ntebe gya bwakabaka, oba bwami, oba kufuga, oba masaza; ebintu byonabyona byatondeibwe niye, era no ku lulwe; 17naye niye w'oluberyeberye mu byonabyona, era ebintu byonabyona bibbaawo mu iye.18Era oyo nigwo omutwe gw'omubiri, niye kanisa: oyo nirwo oluberyeberye, omuberyeberye ow'omu bafu; iye kaisi abbenga ow'oluberyeberye mu byonabyona. 19Kubanga Itawaisu yasiimire okutuukirira kwonakwona okubbanga mu iye; 20n'okutabaganyisia ebintu byonabyona eri iye mwene mu iye, bwe yamalire okuleeta emirembe olw'omusaayi gw'omusalaba gwe; mu iye okutabaganyisia oba eby'oku nsi oba eby'omu igulu.21Mwena, bwe mwabbaire eira banaigwanga era abalabe mu kulowooza kwanyu mu bikolwa ebibbiibi, naye atyanu yabatabaganyisirye 22mu mubiri ogw'enyama ye olw'okufa, okubanjula abatukuvu, ababulaku mabala abatasiisikibwa mu maiso ge: 23bwe mubba obubeezi mu kwikirirya, nga mugumire, nga temusagaasagana, so nga temuviire mu isuubi ly'enjiri gye mwawulire, eyabuulirwe mu bitonde byonabyona ebiri wansi w'eigulu; nze Pawulo gye nafuukire omuweereza waayo.24Atyanu nsanyukire mu bibonoobono byange ku lwanyu, era ntuukirizia ebibulaku mu kubona enaku kwa Kristo mu mubiri gwange olw'omubiri gwe, niiyo e kanisa; 25nze gye nafuukire omuweereza waayo, ng'obuwanika bwa Katonda bwe buli bwe naweeweibwe gye muli, okutuukirirya ekigambo kya Katonda, 26ekyama ekyagisiibwe okuva eira n'eira n'emirembe n'emirembe: naye atyanu kyoleseibwe eri abatukuvu be, 27Katonda be yatakire okutegeeza obugaiga obw'ekitiibwa eky'ekyama kino bwe buli mu b'amawanga, ekyo niye Kristo mu imwe, eisuubi ery'ekitiibwa:28niiye gwe tubuulira ife, nga tulabula buli muntu, era nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonagona, kaisi twanjule buli muntu ng'atutukiriire mu Kristo; 29n'okufuba kye nfubira era, nga mpakana ng'okukola kwe bwe kuli, okukolera mu nze n'amaani.
1Kubanga ntaka imwe okumanya okufuba bwe kuli okunene kwe nina ku lwanyu n'abo ab'omu Lawodikiya, ne bonabona abatabonanga maiso gange mu mubiri; 2emyoyo gyabwe kaisi gisanyusibwe, nga bagaitibwa wamu mu kutakagana, n'okutuuka ku bugaiga bwonabwona obw'okumanyira kimu okw'amagezi, bategeerenga ekyama kya Katonda, niye Kristo, 3omuli obugaiga bwonabwona obw'amagezi n'obw'okutegeera nga bugisiibwe.4Ekyo kye ntumula nti omuntu yenayena alemenga okubabbeeyabbeeya mu bigambo eby'okusendasenda. 5Kubanga newankubaire nga mbulayo mu mubiri, naye mu mwoyo ndi naimwe, nga nsanyuka era nga mbona empisa gyanyu ensa, n'obunywevu obw'okwikiriria kwanyu mu Kristo.6Kale nga bwe mwaweweibwe Kristo Yesu Mukama waisu mutambulirenga mutyo mu iye, 7nga mulina emizi, era nga muzimbibwa mu iye, era nga munywezebwa okwikiriria kwanyu, nga bwe mwayigirizibwe, nga musukirira okwebalya.8Mwekuume tewabbengawo muntu abanyaga mu bufirosoofo n'eby'obubbeyi ebibulamu, okusengereryanga ebyayigirizibwe abantu okusengereryanga eby'oluberyeberye eby'ensi, okutali kusengererya Kristo 9kubanga mu oyo nimwo mutyama okutuukirira kwonakwona okw'obwakatonda ng'omubiri bwe guli,10era mwatuukiririre mu iye, nigwo mutwe ogw'okufuga n'obuyinza bwonabwona 11era mwakomoleibwe mu oyo obukomole obutakomolebwa na mikono, mu kwambula omubiri ogw'enyama, mu kukomolebwa kwa Kristo; 12bwe mwaziikirwe awamu naye mu kubatizibwa, era kwe mwazuukiriremu olw'okwikirirya okukola kwa Katonda, eyamuzuukizirye mu bafu.13Mwena bwe mwabbaire nga mufwire olw'ebyonoono byanyu n'obutakomolebwa mubiri gwanyu, yabafiire balamu wamu naye, bwe yamalire okutusonyiwa ebyonoono byaisu byonabyona; 14n'okusangula endagaano eyawandiikibwe mu mateeka, eyatwolekeire, eyabbaire omulabe waisu: yoona n’agitoolamu wakati mu ngira, bwe yagikomereira ku musalaba: 15bwe yayambulire kimu obwami n’amasaza, n'abiwemuukirirya mu lwatu, bwe yabiwangulire ku igwo.16Kale omuntu yenana tabanenyanga mu by'okulya oba mu by'okunywa, oba olw'embaga oba olw'omwezi oguboneka oba olwa sabbiiti: 17ebyo nikyo ekiwolyo ky'ebyo ebyaba okwiza; naye omubiri nigwo gwa Kristo.18Omuntu yenayana tabanyagangaku mpeera yanyu mu kwewombeeka kw'ataka yenka n'okusinzanga bamalayika, ng'anywezeria mu ebyo bye yaboine, nga yeegulumiririzia bwereere mu magezi ag'omubiri gwe, 19so nga tiyegisire Mutwe, omuva omubiri gwonagwona, enyingo n'ebinywezia nga biguleetera era nga bigugaita wamu, nga gukula n'okukulya kwa Katonda.20Oba nga mwafiilire wamu ne Kristo okuleka eby'oluberyeberye eby'ensi, kiki ekibeeteekesia wansi w'amateeka, ng'abakaali abalamu mu nsi nti 21Tokwatangaku, so tolegangaku, so tokomangaku 22(ebyo byonabyona biweerawo mu kukolebwa) okusengereryanga ebiragiro n'okuyigiriza eby'abantu? 23Ebyo birina kimu ekifaananyi eky'amagezi mu kusinza Katonda abantu kwe bagunja bonka, ne mu kwewombeeka ne mu kubonyaabonya omubiri; naye babulaku kye bigasa n'akadidiiri olw'okwegomba kw'omubiri.
1Kale oba nga mwazuukirire wamu ne Kristo, musagirenga ebiri waigulu, Kristo gy'ali ng'atyaime ku mukono omulyo ogwa Katonda. 2Mulowoozenga ebiri waigulu, so ti ebiri ku nsi. 3Kubanga mwafire, n'obulamu bwanyu bugisiibwe wamu ne Kristo mu Katonda. 4Kristo, obulamu bwaisu, bw'alibonekera, era mwena kaisi ne mubonekebwa wamu naye mu kitiibwa.5Kale mufiikye ebitundu byanyu ebiri ku nsi; obwenzi, obugwagwa, okwegomba okw'ensoni, omuwudu omubbiibi, n'okuyaayaana, niikwo kusinza ebifaananyi; 6olw'ebyo obusungu bwa Katonda bwiza ku baana abatawulira; 7era mwena mu ebyo niimwo mwe mwatambuliranga eira, bwe mwabbaire abalamu mu ibyo. 8Naye atyanu era mwena mutoolewo byonabyona, obusungu, ekiruyi, eitima, okuvuma, okuloogya eby'ensoni mu munwa gwanyu:9temubbeyagananga mwenka na mwenka; kubanga mwamweyambwireku omuntu ow'eira wamu n'ebikolwa bye, 10ne muvaala omuntu omuyaka, afuulibwa omuyaka olw'okutegeera mu kifaananyi ky'oyo eyamutondere: 11awo tewasobola kubbaawo Muyonaani n'Omuyudaaya, okutayirirwa n'obutatayilirwa, munaigwanga, Omusukusi, omwidu, ow'eidembe: naye Kristo nibyo ebintu byonabyona ne mu byonabyona.12Kale muvaalenga ng'abalonde ba Katonda, abatukuvu era abatakibwa, omwoyo ogw'ekisa, obusa, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikirizia; 13nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwenka na mwenka, omuntu yenayena bw'abbanga n'ensonga ku muntu mwinaye; era nga Mukama waisu bwe yabasonyiwire imwe, era mwena mutyo: 14ku ebyo byonabyona era muvaale okutakagana, nikyo ekintu ekinyweza okutuukirira.15Era emirembe gya Katonda giramulenga mu myoyo gyanyu, era gye mwayeteirwe mu mubiri ogumu; era mubbenga n'okwebalya. 16Ekigambo kya Kristo kibbenga mu imwe n'obugaiga mu magezi gonagona; nga muyigirizagananga era nga mulabulagananga mwenka na mwenka mu zabbuli n'enyembo n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga mwembera Katonda mu kisa mu myoyo gyanyu. 17Era buli kye mwakolanga, mu kigambo oba mu kikolwa, mukolerenga byonabyona mu liina lya Mukama waisu Yesu, nga mwebalya Katonda Itawaisu ku bubwe.18Abakali, muwulirenga baibawanyu, nga bwe kiri ekisa mu Mukama waisu. 19Abasaiza, mutakenga bakali banyu, so temubakwatirwanga bukambwe. 20Abaana abatobato, muwulirenga bakaire banyu mu byonabyona, kubanga ekyo niikyo ekisiimibwa mu Mukama waisu. 21Baitwabwe, temunyiizanga baana banyu, balemenga okwiririra omwoyo.22Abaidu, muwulirenga bakama banyu ab'omu mubiri mu byonabyona, ti mu kuweereza okw'okungulu ng'abasiimibwa abantu, wabula mu mwoyo ogubula bukuusa, nga mutya Mukama waisu: 23buli kye mwakolanga mukolenga n'omwoyo, nga ku bwa Mukama waisu so ti ku bwa bantu; 24nga mumaite nga mulisasulibwa Mukama waisu empeera ey'obusika: muli baidu ba Mukama waisu Kristo. 25Kubanga ayonoona aliweebwa kabite nga bwe yayonoonere: so wabula kusosola mu bantu.
1Bakama baabwe, mugabirenga Abaidu banyu eby'obutuukirivu n'okwenkanyankanyanga; nga mumaite nga era mwena mulina Mukama wanyu mu igulu.2Munyiikirirenga mu kusaba, nga mumoganga mu kusaba mu kwebalya; 3ate nga mutusabira feena, Katonda okutwigulirawo olwigi olw'ekigambo, okutumula ekyama kya Kristo, n'okusibibwa kye nasibiirwe; 4Kaisi nkyolesenga, nga bwe kiŋwanire okutumula.5Mutambulirenga mu magezi eri abo ab'ewanza, nga mweguliranga eibbanga. 6Ebigambo byanyu bibbeenga n'ekisa enaku gyonagyona, nga bituukamu omunyu, kaisi mumanye bwe kibagwaniire okwiramu buli muntu yenayena.7Tukiko, ow'oluganda omutakibwa era omuweereza omwesigwa era mwidu munaisu mu Mukama waisu, alibategeeza ebifa gye ndi byonabyona: 8gwe ntuma gye muli olw'ensonga eno, kaisi mutegeere ebifa gye tuli era asanyusie emyoyo gyanyu; 9wamu ne Onnessimo, ow'oluganda omwesigwa omutakibwa, ow'ewanyu, Balibategeeza ebifa wano byonabyona.10Alisutaluuko, musibe munange, abasugiirye, ne Mako, mwiwa wa Balunabba, (gwe mwalagirwe; bw'aliiza gye muli, mumwanirizanga), 11ne Yesu ayetebwa Yusito, ab'omu bakomole: abo bonka niibo abakozi banange olw'obwakabaka bwa Katonda, abansanyusanga.12Epafula, ow'ewanyu, omwidu wa Kristo Yesu, abasugiirye, afuba enaku gyonagyona ku lwanyu mu kusaba kwe, kaisi mwemererenga nga muli batuukirivu era nga mutegeerera kimu mu byonabyona Katonda by'ataka. 13Kubanga ndi mujulizi we ng'alina emirimu mingi ku lwanyu, n'ab'omu Lawodikiya, n'ab'omu Kiyerapoli. 14Luka, omusawo omutakibwa, ne Dema babasugiirye.15Musugirye ab'oluganda ab'omu Lawodikiya, ne Nunfa, n'ekanisa ey'omu nyumba yaabwe. 16Era ebbaluwa eno bw'emalanga okusomerwa mu imwe, era mugisomere ne mu kanisa ey'Abalawodikiya; era mwena musome eriva mu Lawodikiya. 17Era mukobe Alukipo nti Weekuumenga okuweereza kwe waweweibwe mu Mukama waisu, okukutuukirirya18Kuno niikwo kulamusa kwange n'omukono gwange nze Pawulo. Mwijukirenga okusibibwa kwange. Ekisa kibbenga naimwe.
1Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekanisa ey'Abasesalonika eri mu Katonda Itawaisu ne Mukama waisu Yesu Kristo: ekisa kibbenga gye muli n'emirembe.2Twebalya Katonda ku lwanyu mwenamwena enaku gyonagyona, nga tubatumulaku mu kusaba kwaisu; 3nga twijukira bulijo omulimu gwanyu ogw'okukwikirirya, n'okufuba okw'okutaka, n'okuguminkiriza okw'eisuubi lya Mukama waisu Yesu Kristo, mu maiso ga Katonda era Itwaisu;4nga tumaite, ab'oluganda abatakibwa Katonda, okulondebwa kwanyu, 5kubanga enjiri yaisu teyaizire gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maani, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi; nga bwe mumaite bwe twabbaire gye muli ku lwanyu.6Mwena ne mutusengererya ife ne Mukama waisu, bwe mwatooleire ekigambo mu kubonaabona okungi, n'eisanyu ery'Omwoyo Omutukuvu; 7imwe n'okubba ne mubba ekyokuboneraku eri abaikirirya bonabona mu Makedoni ne mu Akaya.8Kubanga gye muli niiyo yaviire eidoboozi ly'ekigambo kya Mukama waisu, ti mu Makedoni ne mu Akaya yonka, naye mu buli kifo okwikirirya kwanyu eri Katonda kwabunire; tutyo ne tutabbaaku kigambo kye twetaaga okutumula. 9Kubanga ibo bonka babuuliire ebyaisu okuyingira kwaisu gye muli bwe kwabbaire; era ne bwe mwakyukiire Katonda okuleka ebifaananyi, okuweereryanga Katonda omulamu ow'amazima, 10n'okulindiriranga Omwana we okuva mu igulu, gwe yazuukiire mu bafu, Yesu, atulokola mu busungu obwaba okwiza.
1Kubanga imwe mwenka, ab'oluganda, mumaite ng'okuyingira kwaisu gye muli tekwabbaire kwo bwereere: 2naye bwe twamalire okubonaabona okukolerwa ekyeju mu Firipi, nga bwe mumaite, ne tugumira mu Katonda waisu okubuulira gye muli enjiri ya Katonda mu kufuba okungi.3Kubanga okubuulirira kwaisu ti kwo bubbeyi, so ti kwo bugwagwa, so ti mu bukuusa: 4naye nga bwe twasaanyiziibwe Katonda okugisisibwa enjiri, bwe tutumula tutyo, ti ng'abataka okusiimibwa abantu, wabula Katonda akema emyoyo gyaisu.5Kubanga tetubbanga ne kigambo eky'okwegondya, nga bwe mumaite, waire n'ensonga ey'okugisa okwegomba, Katonda niiye mujulizi; 6waire nga tusagira ekitiibwa eri abantu, waire eri imwe,7Naye twabbaire bawombeefu mu imwe, ng'omuleri bw'aijanjaba abaana be iye: 8tutyo bwe twabalumiirwe omwoyo, ne tusiima okubagabira, ti njiri ya Katonda yonka, era naye n'emyoyo gyaisu ife, kubanga mwabbaire batakibwa baisu inu. 9Kubanga mwijukira, ab'oluganda, okufuba kwaisu n'okutegana: bwe twakolanga emirimu emisana n'obwire, obutazitoowereranga muntu yenayena ku imwe, ne tubabuuliranga enjiri ya Katonda.10Niimwe bajulizi era ne Katonda, bwe twabbanga n'obutukuvu n'obutuukirivu awabula kunenyezebwa eri imwe abaikirirya: 11nga bwe mumaite ife bwe twabbaire edi buli muntu ku imwe, nga itawabwe bw'abba eri abaana be, nga tubabuulirira era nga tubagumya emyoyo era nga tutegeeza, 12kaisi mutambulenga nga bwe kisaanira Katonda abeeta okuyingira mu bwakabaka bwe iye n'ekitiibwa.13Feena kyetuva twebalya Katonda obutayosya, kubanga bwe mwaweweibwe ife ekigambo eky'okuwulirwa, niikyo kya Katonda, temwakitoire nge kigambo kya bantu, naye nga bwe kiri amazima, ekigambo kya Katonda, n'okukola ekikolera mu imwe abaikirirya.14Kubanga imwe, ab'oluganda, mwasengereirye ekanisa gya Katonda egiri mu Buyudaaya mu Kristo Yesu: kubanga mwena mwabonyaabonyezeibwe mutyo ab'eigwanga lyanyu imwe, nga boona bwe baabonyaabonyezeibwe Abayudaaya; 15abaitire Mukama waisu Yesu ne banabbi, era abatubbingire, so tebasiimibwa Katonda, era balabe ba bantu bonabona; 16nga batuziyizia okubuulira ab'amawanga kaisi balokoke; okutuukiriya ebibbiibi byabwe enaku gyonagyona: naye obusungu bubatuukireku obumalira dala.17Naye ife, ab'oluganda, bwe mwatwawukanireku akaseera akatono (akadidiiri), mu maiso ti mu mwoyo, tweyongera inu okufuba okubabona mu maiso ganyu n'okubalumirwa einu omwoyo: 18kubanga tutaka okwiza gye muli, nze Pawulo omulundi ogw'oluberyeberye era n'ogw'okubiri; Setaani n'atuziyizia. 19Kubanga eisuubi lyaisu ki oba isanyu oba ngule ey'okwenyumirizia? Bwe mutabba imwe, mu maiso ga Mukama waisu Yesu mu kwiza kwe? 20Kubanga niimwe kitiibwa kyaisu n'eisanyu.
1Kyetwaviire nitusiima okulekebwa enyuma fenka mu Asene, bwe tutasoboire kuguminkiriza kabite; 2ne tutuma Timoseewo mugande waisu era omuweereza wa Katonda mu njiri ya Kristo, okubanywezia n'okubasanyusya olw'okwikirirya kwanyu; 3omuntu yenayena aleke okusagaasagana mu kubonaabona kuno; kubanga mwenka mumaite ng'ekyo niikyo kye twateekeirwewo.4Kubanga mazima, bwe gabula gye muli, twababuuliire oluberyeberye nga twaba okubonaabona; era bwe kyabbaire kityo era nga bwe mumaite. 5Nzena Kyenaviire ntuma, bwe ntasoboire kugumiikiriza ate, kaisi manye okwikirirya kwanyu; oba nga koizi omukemi oyo yabakemere okufuba kwaisu ne kubba okw'obwereere.6Naye Timoseewo atyanu bwe yaizire gye tuli ng'ava gye muli, n'atuleetera ebigambo ebisa eby'okwikirirya n'okutaka kwanyu, era nga mutwijukira kusa enaku gyonagyona, nga mutulumirirwa okutubona, era nga ife bwe tubalumirirwa imwe; 7Kyetwaviire tusanyusibwa, ab'oluganda, ku lwanyu mu kubona enaku n'okubonaabona kwaisu kwonakwona olw'okwikirirya kwanyu:8kubanga atyanu tuli balamu, imwe bwe mwemerera mu Mukama waisu. 9Kubanga kwebalya ki kwe tuyinza okusasula Katonda ku lwanyu, olw'eisanyu lyonalyona lye tusanyuka ku lwanyu mu maiso ga Katonda waisu; 10emisana n'obwire nga tusaba inu dala okubona ku maiso ganyu, n'okutuukirirya ebitatuuka mu kwikirirya kwanyu?11Naye Katonda mwene era Itawawaisu, ne Mukama waisu Yesu agolole engira yaisu okwiza gye muli: 12mwena Mukama waisu abongerengaku abasukiriryenga okutakagananga mwenka na mwenka n'eri bonabona, era nga feena eri imwe; 13kaisi anywezenga emyoyo gyanyu nga gibulaku kunenyezebwa mu butukuvu, mu maiso ga Katonda waisu era Itawaisu, mu kwiza kwa Mukama waisu Yesu wamu n'abatukuvu be bonabona.
1Kale, ab'oluganda, ebisigaireyo, tubeegayirira tubabuulirira mu Mukama waisu Yesu, nga bwe mwaweweibwe ife bwe kibagwanira okutambulanga n'okusiimibwanga Katonda, era nga bwe mutambula; okweyongerangaku kabite. 2Kubanga mumaite ebiragiro bwe biri bye twabalagiire ku bwa Mukama waisu Yesu.3Kubanga ekyo Katonda ky'ataka, okutukuzibwa kwanyu, okwewalanga obwenzi; 4buli muntu ku imwe okumanyanga okufuga omubiri gwe iye mu butukuvu n'ekitiibwa, 5ti mu muwudu ogw'okwegomba, era ng'amawanga agatamaite Katonda; 6alekenga okuyingirira mugande waire okumusobyaku mu kigambo ekyo: kubanga Mukama waisu awalana eigwanga ery'ebyo byonabyona, era nga bwe twasookere okubabuulira n'okutegezerya dala.7Kubanga Katonda teyatweteire bugwagwa, wabula mu butukuvu. 8Kale agaana tagaana muntu, wabula Katonda, abawa Omwoyo we Omutukuvu.9Naye okuwandiikirwa ku by'okutakagana ab'oluganda okwo temukwetaaga: kubanga imwe mwenka mwayigiriziibwe Katonda okutakagananga; 10kubanga n'okukola mukola mutyo ab'oluganda bonabona ab'omu Makedoni yonka. Naye tubabuulirira ab'oluganda, okweyongeranga okusukirira; 11era mwegombe okutengeranga, n'okukolanga ebyanyu imwe, n'okukolanga emirimu n'emikono gyanyu, nga bwe twabalagiire; 12kaisi mutambulirenga mu mpisa ensa eri ab'ewanza, nga mubulaku kye mwetaaga.13Naye tetutaka imwe obutategeera, ab'oluganda, eby'abo abagonere; mulekenga okunakuwala, era ng'abandi ababula eisuubi. 14Kubanga bwe twikirirya nga Yesu yafiire n'azuukira, era Katonda alireeta atyo abagonere ku bwa Yesu wamu naye. 15Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waisu, nga ife abalamu abaasigairewo okutuusa okwiza kwa Mukama waisu tetulisooka abagonere.16Kubanga Mukama waisu mwene aliika okuva mu igulu n'okutumulira waigulu n'eidoboozi lya malayika omukulu n'eikondeere lya Katonda: n'abo abaafiirire mu Kristo niibo balisooka okuzuukira: 17feena abalamu abaasigairewo kaisi ne tutwalibwa wamu nabo mu bireri okusisinkana Mukama waisu mu ibanga: kale tutyo twabbanga ne Mukama waisu enaku gyonagyona. 18Kale musanyusaganenga mwenka na mwenka n'ebigambo bino.
1Naye eby'entuuko n'ebiseera, ab'oluganda, temwetaaga kubiwandikirwa. 2Kubanga mwenka mumanyiire kimu ng'olunaku lwa Mukama waisu lwiza ng'omwibbi obwire, lutyo. 3Bwe balibba nga batumula nti Mirembe, wabula kabbiibi, okuzikirizia okw'amangu kaisi ne kubaizira, ng'okulumwa bwe kwizira omukali ali Ekida; so tebaliwona n'akatono (n'akadidiiri).4Naye imwe, ab'oluganda, temuli mu ndikirirya, olunaku ludi okubagwikirirya ng'omwibbi: 5kubanga imwe mwena muli baana bo kutangaala, era muli baana bo musana: tetuli bo bwire waire ab'endikiriria; 6kale tulekenga okugona ng'abaandi, naye tumogenga tulekenga okutamiira. 7Kubanga abagona, bagona bwire; n'abatamiira, batamiira bwire.8Naye ife, kubanga tuli bo musana, tulekenga okutamiira, nga tuvaire eky'omu kifubba eky'okwikirirya n'okutaka, n'enkoofiira, eisuubi ly'obulokozi. 9Kubanga ife Katonda teyatuteekeirewo busungu, wabula okuweebwa obulokozi ku bwa Mukama waisu Yesu Kristo, 10eyatufiriire ife, bwe tumoga oba bwe tugona kaisi tubbe abalamu wamu naye. 11Kale musanyusaganenga, era muzimbaganenga buli muntu mwinaye, era nga bwe mukola.12Naye tubeegayirira, ab'oluganda, okumanyanga abafuba okukola emirimu mu imwe, ababafuga mu Mukama waisu, abababuulirira; 13n'okuteekangamu ekitiibwa einu dala mu kutaka olw'omulimu gwabwe. Mubbenga n'emirembe mu imwe. 14Era tubabuulirira, ab'oluganda, munenyenga abatatambula okusa, mugumyenga abalina omwoyo omunafu, muyambenga ababula maani, muguminkirizenga eri bonabona.15v15 Mubone omuntu yenayena alekenga okuwalana ekibbiibi olw'ekibbiibi; naye enaku gy'onagyona musengereryenga ekisa mwenka na mwenka n'eri bonabona. 16Musanyukenga enaku gy'onagyona; 17musabenga obutayosya; 18mwebalyenga mu kigambo kyonakyona: kubanga ekyo Katonda ky'abatakirya mu Kristo Yesu gye muli.19Temuziyizianga Mwoyo; 20temunyoomanga bunabbi; 21mugezyengaku ku bigambo byonabyona; munywezeryenga dala ekisa; 22mwewalenga buli ngeri yo bubbiibi.23Era Katonda ow'emirembe mwene abatukulirye dala; era omwoyo gwanyu n'obulamu n'omubiri byonabyona awamu bikuumibwenga awabula kunenyezebwa mu kwiza kwa Mukama waisu Yesu Kristo. 24Abeeta mwesigwa, n'okukola niiye alikola25Ab'oluganda, mutusabirenga. 26Musugirye ab'oluganda bonabona n'okunywegera okutukuvu. 27Mbalayiria Mukama waisu okusomera ebbaluwa eno ab'oluganda bonabona. 28Ekisa kya Mukama waisu Yesu Kristo kibbenga wamu naimwe.
1Pawulo ne Sirwano ne Timoseewo eri ekanisa ey'Abasesalonika mu Katonda Itawaisu ne Mukama waisu Yesu Kristo; 2ekisa kibbenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Itawaisu ne Mukama waisu Yesu Kristo.3Kitugwaniire okwebalyanga Katonda enaku gyonagyona ku lwanyu, ab'oluganda, nga bwe kisaana, kubanga okwikirirya kwanyu kukula inu, n'okutakagana kwa buli muntu ku imwe mwenamwena mwenka na mwenka kweyongera; 4feena beene n'okwenyumirizia ne twenyumirizia mu imwe mu kanisa gya Katonda olw'okuguminkiriza kwanyu n'okwikirirya mu kuyiganyizibwa kwanyu kwonakwona n'okubonaabona kwe muzibiikirizia; 5ebyo niiko kabonero k'omusango gwa Katonda ogw'ensonga; kaisi musaanyizibwe obwakabaka bwa Katonda, n'okubonaabona bwe mubonaabonera:6oba nga kye nsonga eri Katonda okubasasula okubonaabona abababonyaabonya, 7era mweena ababonyaabonyezebwa okubasasula okwesiima awamu naife, mu kubikulibwa kwa Mukama waisu Yesu okuva mu igulu awamu na bamalayika ab'obuyinza bwe, 8mu musyo ogwaka, ng'awalana eigwanga abatamaite Katonda, boona abatagondeire njiri ya Mukama waisu Yesu:9abalibonerezebwa, niikwo kuzikirira emirembe n'emirembe okuva mu maiso ga Mukama waisu no mu kitiibwa ky'amaani ge, 10bw'aliiza okuweebwa ekitiibwa mu batukuvu be, n'okwewuunyizibwa mu bonabona abaikirirya (kubanga okutegeeza kwaisu gye muli kwaikirizibwe) ku lunaku ludi.11Kyetuva tubasabira enaku gyonagyona, Katonda waisu abasaanyizie okwetebwa kwanyu, era atuukirirye n'amaani buli kye mutaka eky'okusa na buli mulimu ogw'okwikirirya; 12eriina lya Mukama waisu Yesu kaisi liweebwe ekitiibwa mu imwe, era mweena mu iye, ng'ekisa kya Katonda waisu no Mukama waisu Yesu Kristo bwe kiri.
1Naye tubeegayirira, ab'oluganda, olw'okwiza kwa Mukama waisu Yesu Kristo n'olw'okukuŋaana kwaisu gy'ali; 2obutasagaasagana mangu mu magezi ganyu, waire okweraliikirira waire olw'omwoyo, waire olw'ebbaluwa efaanana ng'eviire gye tuli, nti olunaku lwa Mukama waisu lutuukire;3omuntu yenayena tababbeyanga mu kigambo kyonakyona: kubanga olunaku olwo teruliiza wabula ng'okwawukana kudi kumalire kubbaawo, era omuntu odi ow'okwonoona nga alimala okubikuliwa, omwana w'okuzikirira, 4aziyizia era eyeegulumiza okusinga buli kintu ekyetebwa Katonda oba ekisinzibwa, n'okutyama n'atyama mu yeekaalu ya Katonda, nga yeeraga yenka nti niiye Katonda.5Temwijukira, nga bwe nabbaire nga nkaali naimwe, nabakobeire ebyo? 6Era ne atyanu ekiroberya mukimanyi, kaisi abikuke mu ntuko ye. 7Kubanga ne atyanu ekyama eky'obujeemu kiriwo kikola: wabula kyoka aziyizya atyanu okutuusya lw'alitolebwawo.8Awo omujeemi odi kaisi n'abikuka, Mukama waisu Yesu gw'aliita n'omwoka ogw'omu munwa gwe, era gw'alizikirirya n'okubonesebwa kw'okwiza kwe; 9naye okwiza kw'oyo kuli mu kukola kwa Setaani n'amaani gonagona n'obubonero n'eby'amagero eby'obubbeyi, 10n'okukyamya kwonakwona okutali kwo butuukirivu eri abo abagota; kubanga tebaikirirye kutaka mazima, kaisi balokoke.11Katonda kyava abasindikira okukyamya okukola, baikirirye eby'obubbeyi: 12Bonabona kaisi basalirwe omusango abataikirirye mazima naye abasanyukiire obutali butuukirivu.13Naye Kitugwaniire ife okwebalyanga Katonda enaku gyonagyona ku lwanyu, ab'oluganda abatakibwa Mukama waisu, kubanga Katonda yabalondeire bulokozi okuva ku luberyeberye mu kutukuzibwa Omwoyo n'okwikirirya amazima 14bye yabeteire n'enjiri yaisu olw'okufuna ekitiibwa kya Mukama waisu Yesu Kristo. 15Kale ab'oluganda, mwemererenga, era munywezenga bye mwaweweibwe ne mwegeresebwa, oba mu kigambo oba mu bbaluwa yaisu.16Naye Mukama waisu Yesu Kristo mwene, ne Katonda Itawaisu, eyatakire n'atuwa okusanyusa okutawaawo n'eisuubi eisa mu kisa, 17abasanyusie emyoyo gyanyu aginywezienga mu buli kikolwa n'ekigambo ekisa.
1Ebisigaireyo, ab'oluganda, mu tusabirenga ekigambo kya Mukama waisu, kiwulukuke, kiweebwenga ekitiibwa, era nga mu imwe; 2era tulokoke eri abantu ababula magezi, ababbiibi; kubanga okwikirirya ti kwa bonabona. 3Naye Mukama waisu mwesigwa, alibanywezia, yabakuumanga eri omubbiibi.4Era twesiga Mukama waisu mu bigambo byanyu, nga mukola bye tulagira era mwabikolanga. 5Era Mukama waisu aluŋamyenga emyoyo gyanyu okutuuka mu kutaka kwa Katonda ne mu kuguminkiriza kwa Kristo.6Era tubalagira, ab'oluganda mu liina lya Mukama waisu Yesu Kristo, mweyawulenga eri buli ow'oluganda atatambula kusa waire mu mpisa gye baaweweibwe ife. 7Kubanga imwe beene mumaite bwe kibagwanira okutusengereryanga: kubanga tetwalemereirwe kutambula kusa mu imwe; 8so tetulyanga mere yo muntu yenayena yo bwereere, naye mu kufuba n’okukoowa twakolanga emirimu obwire n'emisana obutazitoowerera muntu ku imwe: 9ti kubanga tubula buyinza, naye tweweeyo gye muli ng'ekyokuboneraku kaisi mutusengereryenga.10Kubanga era bwe twabbaire gye muli, twabalagiire tutyo nti Omuntu yenayena bwagaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga. 11Kubanga tuwulira nti eriyo abamu abatatambula kusa mu imwe nga tebakola mirimu gyabwe n'akatono (n'akadidiiri), wabula egy'abandi. 12Abali batyo tubalagira era tubabuulirira mu Mukama waisu Yesu Kristo, okukolanga emirimu n'obuteefu kaisi balyenga emere yaabwe ibo.13Naye imwe, ab'oluganda, temukoowanga mu kukola okusa. 14Era omuntu yenayena bw'atagonderanga kigambo kyaisu mu bbaluwa eno, oyo mumwetegerezianga, so temwegaitanga naye, ensoni kaisi gimukwate. 15So temumulowoozanga ngo mulabe, naye mumubuuliriranga ng'ow'oluganda.16Era Mukama waisu ow'emirembe mweena abawenga emirembe enaku gyonagyona mu bigambo byonabyona. Mukama waisu abbenga naimwe mwenamwena. 17Kuno niikwo kusugirya kwange Pawulo n'omukono gwange, niiko kabonero mu bbaluwa yonayona: ntyo bwe mpandiika. 18Ekisa kya Mukama waisu Yesu Kristo kibbenga naimwe mwenamwena
1Pawulo, omutume wa Kristo Yesu ng'okulagira kwa Katonda Omulokozi waisu bwe kuli n'okwa Kristo Yesu eisuubi lyaisu; 2eri Timoseewo omwana wange dala olw'okwikirirya: ekisa, okusaasira, emirembe bibbenga gy'oli ebiva eri Katonda Itawaisu ne Kristo Yesu Mukama waisu.3Nga bwe nakukobeire okubba mu Efeso, bwe nabbaire nga njaba e Makedoni, olagirenga abandi obutayigirizanga bundi, 4waire okulowoozanga enfumu n'ebigambo by'obuzaale ebitakoma, ebireeta empaka okusinga obuwanika bwa Katonda obuli mu kwikirirya; bwe nkola ntyo ne atyanu.5Naye enkomerero y'ekiragiro niikwo okutaka okuva mu mwoyo omulongoofu n'omwoyo omusa n'okwikirirya okubula bukuusa: 6ebyo abandi babiwunjukamu ne bakyamira mu bigambo ebibulamu; 7nga bataka okubba ng'abegeresya b'amateeka, nga tebategeera bye batumula waire bye bakakasia. 8Naye tumaite ng'amateeka masa, omuntu bw'agasoma ng'amateeka bwe gali,9ng'amaite ekyo nti amateeka tegateekeirwewo muntu mutuukirivu, wabula abatali batuukirivu n'abajeemu, abatatya Katonda n'abalina ebibbiibi, abatali batukuvu n'abavoola Katonda, abaita baitawabwe ne bamawabwe, abaiti b'abantu, 10abenzi, abalya ebisiyaga, abanyagi b'abantu, ababbeya, abalayirira obwereere, n'ebindi byonabyona ebiwakana n'okwegeresya okw'obulamu; 11ng'enjiri bw'eri ey'ekitiibwa kya Katonda eyeebazibwa gye nagisisiibwe nze.12Mwebalya oyo eyampaire amaani, niiye Kristo Yesu Mukama waisu, kubanga yandowoozerye nga ndi mwesigwa, bwe yanteekere mu buweereza, 13olubereberye bwe nabbaire omuvumi era omuyigganya era ow'ekyeju: naye nasaasiirwe kubanga nakolanga nga timaite mu butaikirirya; 14ekisa kya Mukama waisu ne kyeyongera inu wamu n'okwikirirya n'okutaka okuli mu Kristo Yesu.15Ekigambo kyesigwa, era ekisaanira okwikirizibwa kwonakwona nti Kristo Yesu yaizire mu nsi okulokola abalina ebibbiibi; mu ibo niinze w'oluberyeberye; 16naye Kyenaviire nsaasirwa Yesu Kristo kaisi abonekerye mu nze ow'oluberyeberye okugumiinkiriza kwe kwonakwona, okubbanga ekyokuboneraku eri abo abaaba okumwikirirya olw'obulamu obutawaawo. 17Era Kabaka ow'emirembe n'emirembe, atawaawo, ataboneka, Katonda Omumu, aweebwenga eitendo n'ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.18Ekiragiro kino nkugisisya, mwana wange Timoseewo, ng'ebigambo bya banabbi bwe byabbaire bye bakutumwireku eira, kaisi olwanirenga mu byo olutalo olusa, 19ng'onyweza okwikirirya n'omwoyo omusa, abandi gwe basindika edi ne bamenyekerwa okwikirirya kwabwe: 20mu abo niiye Kumenayo ne Alegezanda: be nawaire eri Setaani, kaisi bayigirizibwe obutavumanga.
1Kale okusooka byonabyona mbabuulirira okwegayiriranga n'okusabanga n'okutakabananga n'okwebalyanga bikolebwenga ku lw'abantu bonabona; 2ku lwa bakabaka n'abakulu bonabona; kaisi tubbenga n'obulamu obutereevu obw'emirembe mu kutya Katonda kwonakwona ne mu kwegendereza. 3Ekyo niikyo ekisa, ekikirizibwa mu maiso g'Omulokozi waisu Katonda, 4ataka abantu bonabona okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera kimu amazima.5Kubanga waliwo Katonda mumu, era omutabaganya wa Katonda n'abantu mumu, omuntu Kristo Yesu, 6eyeewaireyo abbe omutango olwa bonabona; okutegeeza kulibbaawo mu ntuuko gyaakwo: 7nze kwe nateekeirwe omubuulizi era omutume (ntumula mazima, timbeya), omuyigiriza w'amawanga olw'okwikirirya n'amazima.8Kyenva ntaka abasaiza basabenga mu buli kifo, nga bayimusia emikono emitukuvu, awabula busungu ne mpaka. 9Batyo n'abakali beeyonjenga mu bivaalo ebisaana, n'okukwatibwa ensoni n'okwegendereza; ti mu kusibanga enziiri, ne zaabu oba luulu oba engoye egy'omuwendo omungi; 10naye (nga bwe kisaanira abakali abeeyeta abatya Katonda) n'ebikolwa ebisa.11Omukali ayegenga mu bwikaikamu mu kugonda kwonakwona. 12Naye omukali mugaine okwegeresyanga, waire okufuganga omusaiza, naye okubbanga mu bwikaikamu.13Kubanga Adamu niiye yasookere okutondebwa, oluvanyuma Kaawa; 14era Adamu ti niye yabbeyeibwe, naye omukali odi niiye yabbeyeibwe nabba mu kwonoona: 15naye yalokokanga mu kuzaala, bwe bweyanyiikiranga mu kwikirirya n'okutaka n'obutukuvu awamu n'okwegendereza.
1Kyesigwa ekigambo ekyo nti Omuntu bw'atakanga obulabirizi, yeegomba mulimu musa. 2Kale omulabirizi kimugwanira obutabbangaku kyo kunenyezebwa, abbenga musaiza wo mukali mumu, atatamiira, mwegendereza, mukwata mpola, asangalira abageni, 3atatonganira ku mwenge, atakubba; naye omuwombeefu, atalwana, ateyegomba bintu;4afuga okusa enyumba ye iye, agondya abaana be mu kitiibwa kyonakyona; 5(naye omuntu bw'atamanya kufuga enyumba ye iye, ayinza atya okwijanjaba ekanisa ya Katonda?)6ti niye oyo eyaakakyuka, alekenga okwekudumbalya n'amala agwa mu musango gwa Setaani. 7Era ate kimugwanira okubbanga n'okutegeezebwa okusa eri abo ab'ewanza, alekenga okugwa mu kuvumibwa no mu kyambika kya Setaani.8Batyo n'abaweereza kibagwanira okubbanga abalimu ekitiibwa, ti b'enimi ibiri, abatanywanga mwenge mungi, ti beegombi be bintu; 9nga bakuuma ekyama eky'okwikirirya mu mwoyo omusa. 10Era ate abo basookenga okukemebwa, kaisi baweerezie, nga babulaku kyo kunenyezebwa.11Batyo n'abakali kibagwanira okubbanga abalimu ekitiibwa, abatawaayiriza, abatatamiira, abeesigwa mu byonabyona. 12Abaweereza babbenga basaiza bo mukali mumu, nga bafuga abaana baabwe kusa n'enyumba gy'abwe ibo. 13Kubanga abamala okuweereza okusa beefunira obukulu obusa n'obugumu bungi mu kwikirirya okuli mu Kristo Yesu.14Nkuwandikiire ebyo nga nsuubira okwiza gy'oli mangu; 15naye bwe ndwanga kaisi obbe ng'omaite bwe kisaana okukolanga mu nyumba ya Katonda, niiyo kanisa ya Katonda omulamu, empagi n'omusingi eby'amazima.16Era awabula kubuusabuusa ekyama eky'okutya Katonda niikyo ekikulu; oyo eyaboneseibwe mu mubiri, n'aweebwa obutuukirivu mu mwoyo, n'abonebwa bamalayika, n'abuulirwa mu mawanga, n'aikirizibwa mu nsi, n'atwalibwa mu kitiibwa.
1Naye Omwoyo atumula lwatu nti mu naku egy'oluvanyuma walibbaawo abaliva mu kwikirirya, nga bawulira emyoyo egigotya n'okwegeresya kwa basetaani, 2olw'obunanfuusi bw'ababbeyi, nga bookyebwa emyoyo gyabwe nga n'ekyoma ekyokya,3nga bawera okufumbirwagananga era nga balagira okulekanga eby'okulya, Katonda bye yatondere biriibwenga mu kwebalya abaikiriya ne bategeerera kimu amazima. 4Kubanga buli kitonde kya Katonda kisa, so wabila kyo kusuula bwe kitoolebwa n'okwebalya: 5kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda n'okusaba.6Bwewaijukiryanga ab'oluganda ebyo, wabbanga muweereza musa owa Kristo Yesu, ng'okulira mu bigambo eby'okwikirirya n'eby'okwegeresya okusa kwe wasengereirye: 7naye enfumu egitali gye eidiini egy'obusirusiru gy'obbe olekanga. Weemanyiriryenga okutya Katonda: 8kubanga okwemanyirirya kw'omubiri kugasa kaseera katono; naye okutya Katonda kugasa mu byonabyona, kubanga kulina okusuubiza kw'obulamu obwa atyanu n'obw'obwaba okwiza.9Ekigambo ekyo kyesigwa era ekisaanira okwikirizibwa kwonakwona. 10Kubanga kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga twasuubiire Katonda omulamu, Omulokozi w'abantu bonabona, okusinga w'abaikirirya,11Lagiranga ebyo obyegeresyenga, 12Omuntu yenayena takunyoomanga lwa buvubuka bwo; naye bbanga kyo kuboneraku eri abo abaikirirya mu kutumulanga, mu kutambulanga: mu kutakanga, mu kwikiriryanga, mu kubbanga omulongoofu. 13Okutuusia lwe ndiiza, nyiikiranga mu kusoma, n'okubuuliriranga, n'okwegeresyanga.14Tolekanga kirabo ekiri mu iwe, kye waweweibwe olw'obunabbi awamu n'okuteekebwaku emikono gy'abakaire. 15Ebyo obirowozenga, obbenga mu ebyo; okubitirira kwo kubonekenga eri bonabona. 16Weekuumenga wenka n'okwegeresya kwo. Nyiikiriranga mu ebyo; kubanga bw'okola otyo, olyerokola wenka era n'abo abakuwulira.
1Tonenyanga mukaire, naye omubuuliriranga nga itaawo abavubuka ng'ab'oluganda: 2abakali abakaire nga mawo; abatobato nga bainyoko mu bulongoofu bwonabwona.3Obawenga ekitiibwa banamwandu ababba banamwandu dala. 4Naye namwandu yenayena bw'abba n'abaana oba baizukulu basookenga okwega okwegendereza eri ab'omu nyumba gyaabwe, n'okusasula bakaire baabwe: kubanga ekyo niikyo ekikirizibwa mu maiso ga Katonda.5Naye abba namwandu dala n'alekebwa yenka, asuubira Katonda, n'anyiikiranga okusaba n'okwegayiriranga emisana n'obwire. 6Naye oyo awoomerwa ebinyumu ng'afiire waire ng'akaali mulamu.7Era n'ebyo obalagire, balekenga okubbaaku eky'okunenyezebwa. 8Naye omuntu yenayena bw'atajanjaba babe n'okusinga ab'omu nyumba ye nga yeegaine okwikirirya, era nga niiye omubbiibi okusinga ataikirirya.9Namwandu yenayena tawandiikibwanga nga akaali okuwerya myaka nkaaga, eyafumbiirwe omusaiza omumu 10asiimibwa mu bikolwa ebisa oba nga yaleranga abaana, oba nga yasangaliranga abageni, oba nga yanabyanga abatukuvu ebigere, oba nga yabbeeranga ababonaabona, oba nga yasengereryanga inu buli kikolwa ekisa.11Naye banamwandu abakaali abatobato obagaanenga: kubanga bwe balikabawala eri Kristo, nga bataka okufumbirwa; 12nga bairya omusango kuba basuula okwikirirya kwabwe okw’oluberyeberye. 13Era ate beega okubbanga abagayaavu, nga batambulatambula okubuna amanyumba naye tebagayaala bugayaali, naye balina olugambo n'akajanja nga batumula ebitasaana.14Kyenva ntaka abakaali abatobato bafumbirwenga, bazaalenga abaana, bafugenga enyumba, balekenga okuwa omulabe eibbanga wayemerera okuvuma: 15kubanga waliwo atyanu abaakyuka okusengererya Setaani. 16Omukali yenayena aikikirirya bw’abbanga na bannamwandu, abayambenga, era ekanisa erekenga okuzitoowererwa, kaisi eyambenga banamwandu dala dala.17Abakaire abafuga okusa basaanyizibwe okuweebwanga ekitiibwa emirundi ibiri, okusinga abafuba mu kigambo n'okwegeresya. 18Kubanga ekyawandiikibwa kitumula nti Tosibanga munwa gwe nte ewuula eŋŋaanu. Era nti Akola emirimu asaanira empeera ye.19Toikiriryanga kiroope ku mukaire awabula bajulizi babiri oba basatu. 20Aboonoona obanenyezianga mu maiso g'abantu bonabona, era n'abandi kaisi batyenga.21Nkukuutirira mu maiso ga Katonda, ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde, weekuumenga ebyo awabula kusalirirya, nga tokola kigambo olw'obuganzi. 22Toyanguwiriryanga kuteekaku mikono ku muntu yenayena, so toteesyanga kimu na bibbiibi by'abantu abandi: weekuume obbenga mulongoofu.23Tonywanga maizi gonka, naye onywanga ne ku mwenge katono (kadiidiri) olw'ekida kyo n'olw'okulwalalwala. 24Waliwo abantu ebibbiibi byabwe bibba mu lwatu; nga bibatangira okwaba mu musango; era n'abandi bibavaaku nyuma. 25Era kityo n'ebikolwa ebisa bibba mu lwatu; ne bwe kitabba kityo tebirirema kwolesebwa.
1Abali mu bufuge abaidu balowoozenga bakama baabwe beene nga basaaniire ekitiibwa kyonakyona, eriina lya Katonda n'okwegeresya kwaisu birekenga okuvumibwa. 2Era abalina bakama baabwe abaikiriya tebabanyoomanga, kubanga bo luganda; naye beeyongerye okubasembezia, kubanga abaikirirya ekimu mu kukolebwa okusa baikirirya era batakibwa. Yegeresyanga ebyo obibuulirirenga.3Omuntu yenayena bw'ayegeresyanga obundi, so nga taikirirya bigambo byo bulamu, niibyo bya Mukama waisu Yesu Kristo, n'okwegeresya okusengereryanga okutya Katonda; 4nga yeekulumbazia, nga bulaku ky'ategeera, wabula okukalambizia obukalambizi empaka n'entalo egy'ebigambo, omuva eiyali, okutongana, okuvuma, okuteerera obubbiibi, 5okukaayana kw'abantu abayonooneka amagezi, abatoleibweku amazima, nga balowooza ng'okutya Katonda niikwo kufuna amagoba.6Naye okutya Katonda wamu n'obutayaayaananga niigo magoba amangi: 7kubanga titwaleetere kintu mu nsi, kubanga era tetusobola kutoolamu kintu; 8naye bwe tubba n’emere n'ebyokuvaala, ebyo byatumalanga.9Naye abataka okugaigawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n'okwegomba okungi okw'obusirusiru okwonoona, okwinika abantu mu kugota n'okuzikirira. 10Kubanga okutaka ebintu niikyo kikolo ky'ebbiibi byonabyona: waliwo abantu abayaayaaniira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kwikirirya, ne beefumitira dala n'enaku enyingi.11Naye iwe, omuntu wa Katonda, irukanga ebyo,osengereryenga obutuukirivu, okutya Katonda, okwikirirya, okutaka, okugumiinkiriza, obuwombeefu. 12Lwananga okulwana okusa okw'okwikirirya, nywezanga obulamu obutawaawo, bwe wayeteirwe, n'oyatula okwatula okusa mu maiso g'abajulizi abangi.13Nkulingirira mu maiso ga Katonda, awa byonabyona obulamu, ne Kristo Yesu eyategeezerye okwatula okusa eri Pontio Piraato; 14weekuumenga ekiragiro awabula eibala, awabula kyo kunenyezebwa, okutuusa ku kukuboneka kwa Mukama waisu Yesu Kristo:15kw'aliraga mu ntuuko gy'akwo Mwene buyinza yenka atenderezebwa, Kabaka wa bakabaka, era Mukama w'abaami; 16alina obutafa yenka, atyama mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenayena gw'atabonangaku, so wabula ayinza okumubona: aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutawaawo. Amiina.17Okuutirenga abagaiga ab'omu mirembe gya atyanu obuteegulumizyanga, waire okwesiga obugaiga obutali bwo lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonabyona olw'obugaiga kaisi twesanyusyenga n'ebyo; 18bakolenga obusa, babeerenga abagaiga mu bikolwa ebisa, babbenga bagabi, baikiriryenga kimu; 19nga beegisira eky'okwemereraku ekisa olw'ebiseera ebyaba okwiza, kaisi banywezenga obulamu dala dala.20Ai Timoseewo, kuumanga kye wagisisiibwe, nga weewala ebigambo ebibulamu ebitali bya Katonda n'okulwana kw'ebigambo eby'okutegeera, okwetebwa kutyo mu bubbeyi; 21waliwo abantu abeegomba okubba nakwo, ne bakyama mu kwikirirya. Ekisa kibbenga naimwe.
1Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okutaka kwa Katonda, ng'okusuubiza bwe kuli okw'obulamu obuli mu Kristo Yesu, 2eri Timoseewo, omwana wange omutakibwa: ekisa, okusaasira, emirembe ebiva eri Katonda Itawaisu ne Kristo Yesu Mukama waisu bituuke gy'oli.3N'ebalya Katonda gwe mpeerezia okuva ku bazeiza bange mu mwoyo omusa, bwe nkwijukira obutayosya mu kusaba kwange emisana n'obwire 4nga nkulumirwa okubona, bwe njijukira amaliga go, kaisi ngizule eisanyu; 5bwe naijukiziibwe okwikirirya okutali kwo bukuusa okuli mu iwe; okwabbanga oluberyeberye mu muzeizawo Looyi ne mu maawo Ewuniike, era ntegereire kimu nga kuli ne mu iwe.6kyenva nkwijukirya okuseesianga ekirabo kya katonda ekiri mu iwe olw'okuteekebwaku emikono gyange. 7kubanga katonda teyatuwaire ife omwoyo ogw'okutya, wabula ogw'amaani era ogw'okutaka era ogw'okwegenderezanga.8kale, tokwatirwanga nsoni kutegeezia kwa mukama waisu, waire nze omusibe we: naye obonyaabonyezebwanga wamu n'enjiri ng'amaani ga katonda bwe gali; 9eyatulokoire n'atweta okweta okutukuvu, ti ng'ebikolwa byaisu bwe biri, wabula okumalirira kwe iye n'ekisa bwe biri, kye twawereirwe mu kristo yesu emirembe n'emirembe nga gikaali kubbaawo, 10naye bibonesebwa atyanu olw'okwolesebwa kw'omulokozi waisu kristo yesu, eyatoirewo okufa n'amulisya obulamu n'obutazikirira olw'enjiri, 11gye nateekeirwewo omubuulizi era omutume era omwegeresya.12era kyenva mbonaabona ntyo: naye tinkwatibwa nsoni; kubanga maite gwe naikiriirye, ne ntegeerera dala ng'ayinza okukuumanga kye namugisisirye okutuusya ku lunaku ludi. 13nywezianga eky'okuboneraku eky'ebigambo eby'obulamu bye wawuliranga gye ndi, mu kwikirirya ne mu kutaka okuli mu kristo yesu. 14ekintu ekisa kye wagisisiibwe okikuumenga n'omwoyo omutukuvu, abba mu ife.15kino okimaite nga bonabona abali mu asiya bankubbire amabega; ku abo niiye fugero ne kerumogene. 16mukama waisu asaasire ennyumba ya onesifolo: kubanga yampumulyanga emirundi mingi, so teyakwatiirwe nsoni lujegere lwange, 17naye bwe yabbaire mu rooma n'anyiikiire okusagira n'okubona n'ambona 18(mukama waisu amuwe okubona okusaasirwa eri mukama waisu ku lunaku ludi); era n'okuweereza kwonakwona kwe yaweerezianga mu efeso, iwe okutegeera kusa inu.
1kale iwe, mwana wange, bbanga wa maani mu kisa ekiri mu kristo yesu. 2era bye wawuliranga gye ndi mu bajulizi abangi, ebyo bigisisyenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okwegeresya n'abandi.3bonaboneranga wamu nanze ng'omulwani omusa owa kristo yesu. 4wabula mulwani bw'atabaala eyeeyingizya mu bizibu eby'obulamu buno, kaisi asiimibwe eyamuwandiikire okubba omulwani. 5naye era omuntu bw'awakana, taweebwa ngule bw'atawakana nga bwe kiragirwa.6omulimi akola emirimu kimugwanira okusooka okutwala ku bibala. 7lowooza kye ntumwire; kubanga mukama waisu yakuwanga okutegeera mu bigambo byonabyona.8ijukira yesu kristo, nga yazuukiire mu bafu, ow'omu izaire lya dawudi, ng'enjiri yange bw'etumula: 9gye mbonaboneramu okutuusia ku kusibibwa, ng'akola obubbiibi; naye ekigambo kya katonda tekisibibwa. 10kyenva ngumiikiriza byonabyona olw'abalonde, era bona kaisi bafune obulokovu obuli mu kristo yesu, wamu n'ekitiibwa ekitawaawo.11ekigambo kino kyesigwa nti kuba oba nga twafiire naye, era tulibba balamu naye 12oba nga tugumiinkiriza, era tulifuga naye: oba nga tulimwegaana era naye alitwegaana ife: 13oba nga tetwikirirya, iye abba mwesigwa kubanga tayinza kwebbeya.14ebyo obibaijukiryanga, ng'obakuutirira mu maiso ga mukama waisu, obutalwananga na bigambo ebitagasa, ebikyamya abawulira. 15fubanga okweraga ng'osiimibwa katonda, omukozi atakwatibwa nsoni, abitya wakati ekigambo eky'amazima.16naye ebigambo ebibulamu ebitali bye idiini obyewalanga: kubanga balibitirira mu butatya katonda, 17n'ekigambo kyabwe kirirya nga kookolo (eibbwa): ku abo niiye kumenayo ne fireeto; 18kubanga baakyama mu mazima, nga batumula ng'okuzuukira kwamalire okubbawo, era waliwo abantu be baafundikire okwikirirya kwabwe.19naye omusingi gwa katonda omugumu gubbeerawo, nga gulina akabonero kano nti mukama waisu amaite ababe: era nti yeewalenga obutali butuukirivu buli ayatula eriina lya mukama waisu. 20naye mu nyumba enene temubbaamu bintu bya zaabu na bya feeza byonka, naye era n'eby'emisaale n'eby'eibumba; n'ebindi eby'ekitiibwa, n'ebindi ebitali bye kitiibwa 21kale omuntu bwe yeerongoosyaku ebyo, yabbanga kintu eky'ekitiibwa, ekyatukuziibwe, ekisaanira omwami okuweerezanga ekyalongooserezeibwe buli mulimu omusa.22naye okwegomba okw'omu buvubuka okwewalanga naye osengereryenga obutuukirivu, okwikirirya, okutaka, emirembe awamu n'abo abamusaba mukama waisu mu mwoyo omulongoofu. 23naye empaka egy'obusirusiru era egy'obutegeresebwa ogirekanga, ng'omaite nga gizaala okulwana.24naye omuwidu wa mukama waisu tekimugwanira kulwananga, wabula okubbanga omwikaikamu eri bonabona, omuyigiriza, omugumiinkiriza, 25abuulirira n'obuwombeefu abawakani, koizi oba nga katonda alibawa okwenenya olw'okutegeerera dala amazima, 26era balitamiirukuka okuva mu mutego gwa setaani, oyo ng'amalire okubakwatisya okukolanga okutaka kw'odi.
1naye tegeera kino nga mu naku egy'oluvanyuma ebiseera eby'okubona enaku biriiza. 2kubanga abantu balibba nga betaka bonka, abataka ebintu, abeenyumirizia, ab'amalala, abavumi, abatagondera bazaire baabwe, abateebalya, abatali batukuvu, 3abatataka bo luganda, abatatabagana, abawaayirirya, abateegendereza, abakambwe, abatataka obusa, 4ab'enkwe, abakakanyali, abeegulumizia, abataka eisanyu okusinga katonda;5nga balina ekifaananyi ky'okutya katonda, naye nga beegaana amaani gaakwo: era bona obakubbanga amabega. 6kubanga ku abo niibo bantu abasenseire mu nyumba ne banyaga abakali abasirusiru abazitoowererwa ebibbiibi ebingi, abafugibwa okwegomba okutali kumu, 7abeega bulijo, ne batasobola enaku gyonagyona okutuuka ku kutegeerera dala mazima.8era nga yane ne yambere bwe baaziyizire musa, na bano batyo baziyizia amazima; bayonooneka amagezi gaabwe, abatasiimibwa mu kwikirirya. 9naye tebalyeyongeraku kubitirira: kubanga obusirusiru bwabwe bulitegeererwa dala abantu bonabona, era ng'obwa badi bwe bwabbaire.10naye iwe wasengereirye inu okwegeresya kwange, empisa gyange, okuteesia kwange, okwikirirya kwange, okugumiinkirizia kwange, okutaka kwange, okulindirira kwange, 11okuyiganyizibwa kwange, okubonaabona kwange; ebyambaireku mu antiyokiya, mu ikoniyo, mu lusitula; okuyiganyizibwa kwe nayiganyizibwanga bwe kwabbaire: era mukama waisu yandokoire mu byonabyona. 12naye era bonabona abataka mu kristo yesu okukwatanga empisa egy'okutya katonda bayiganyizibwanga. 13naye abantu ababbiibi n'abeetulinkirirya balyeyongera okubitiriranga mu bubbiibi, nga babbeya era nga babbeyebwa.14naye iwe bbanga mu ebyo bye wayegere n'otegeerera dala, ng'omaite abakwegeresya bwe bali; 15era ng'okuva mu butobuto wamanyanga ebyawandiikiibwe ebitukuvu ebisobola okukugeziwalya okuyingira mu bulokozi olw'okwikirirya okuli mu kristo yesu.16buli ekyawandikiibwe kirina okuluŋamya kwa katonda, era kigasa olw'okwegeresyanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu; 17omuntu wa katonda alekenga okubulwa kyonakyona, ng'alina ddala byonabyona olwa buli mulimu omusa.
1nkukuutirira mu maiso ga katonda no kristo yesu, alisalira omusango abalamu n'abafu, era n'olw'okuboneka kwe n'obwakabaka bwe; 2buuliranga ekigambo; kubbiririzyanga mu ibbanga erisaaniramu n’eritasaaniramu; weranga, nenyanga, buuliriranga n'okugumiikirizia kwonakwona n'okwegeresya.3kubanga ebiseera biriiza lwe batalikirirya kuwulira kwegeresya kwo bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa, balikuŋaania abegeresya ng'okwegomba kwabwe ibo bwe kuli; 4baliigala amatu okulekanga amazima, balikyama okusengereryanga enfumu obufumu. 5naye iwe tamiirukukanga mu byonabyona, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw'omubuulizi w'enjiri, tuukiriryanga okuweererya kwo.6kubanga nze atyanu nfukibwa, n'ebiseera eby'okulekulibwa kwange bituuse. 7nwaine okulwana okusa, olugendo ndutuukirye, okwikirirya nkukuumire: 8ekisigaireyo, engisisiibwe engule ey'obutuukirivu mukama waisu gy'alimpeera ku lunaku ludi, asala emisango egy'ensonga: so ti niinze nzenka naye era ne bonabona abataka okuboneka kwe.9fuba okwiza gye ndi mangu: 10kubanga dema yandekerewo, ng'ataka emirembe egya atyanu, n'ayaba e sesalonika; kulesuke e galatiya, tito e dalumatiya.11luka niiye eyabbaire awamu nanze yenka. twala mako, omuleete wamu naiwe; kubanga angasa olw'okuweerezya. 12naye tukiko namutumire mu efeso. 13ekivaalo kye nalekere mu tulowa ewa kappo, bw'olibba ng'oiza, kireete, n'ebitabo, naye, okusinga, bidi eby'amadiba.14alegezanda omuweesi w'ebikomo yankolere obubbiibi bungi: mukama waisu alimusasula ng'ebikolwa bye bwe byabbaire: 15oyo weena omwekuumanga; kubanga yaziyizire inu ebigambo byaisu. 16mu kuwozya kwange okw'oluberyeberye wabula eyanyambire, naye bonabona banjabuliire: nsaba baleke okukibalirwa.17naye mukama waisu yayemereire kumpi nanze, n’ampa amaani; nze kaisi ntuukirizie kye mbuulira, era ab'amawanga bonabona kaisi bawulire: ne ndokoka mu munwa gw'empologoma. 18mukama waisu yandokolanga mu buli kikolwa ekibbiibi, era yankuumanga okutuusia ku bwakabaka bwe obw'omu igulu: aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. amiina.19sugirya pulisika ne akula, n'ennyumba ya onesifolo. 20erasuto yabbaire mu kolinso: naye tulofiimo namulekere mu mireeto ng'alwaire. 21fuba okwiza ebiseera by'empewo nga nga bikaali kutuuka. ewubulo akusugiirye, ne pudente, ne lino, ne kulawudiya, n'ab'oluganda bonabona. 22mukama waisu abbenga n'omwoyo gwo. ekisa kibbenga naimwe.
1Pawulo, omwidu wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo, ng'okwikirirya kw'abalonde ba Katonda bwe kuli n'okutegeera amazima agali mu kutya Katonda, 2mu kusuubira obulamu obutawaawo, Katonda atayinza kubbeeya bwe yasuubizirye ebiseera eby'emirembe n'emirembe nga bikaalikubbaawo; 3naye mu ntuuko gye yabonekeirye ekigambo kye mu kubuulira kwe nagisisiibwe nze ng'ekiragiro kya Katonda Omulokozi waisu bwe kiri;4eri Tito, omwana wange mwenemwene ng'okwikirirya kwaisu fenafena bwe kuli: ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Itawaisu ne Kristo Yesu Omulokozi waisu bibbenga gy'oli. 5Kyenaviire ne nkuleka mu Kuleete, kaisi olongoosenga ebyasigaliire, era oteekenga abakaire mu buli kibuga nga nze bwe nakulagiire;6omuntu bw'atabbangaku musango, ng'alina omukali mumu, ng'alina abaana abaikirirya, abataloopebwa nga balalulalu, so ti abatagonda. 7Kubanga omulabirizi kimugwanira obutabangaku musango, ng'omuwanika wa Katonda; ti mukakanyavu, ti wa busungu, atatonganira ku mwenge, ti akubba, ti eyeegomba amagoba mu bukuusa;8naye ayaniriza abageni, ataka obusa, eyeegendereza, mutuukirivu, mutukuvu, eyeekuuma; 9anyweza ekigambo ekyesigwa ekiri ng'okuyigiriza kwaisu bwe kuli, kaisi ayinzenga okubuulirira mu kuyigiriza okw'obulamu, era n'okusinga abayomba naye.10Kubanga eriyo bangi abatagonda, abatumula ebibulamu, ababbeya, era okusinga bo mu bakomole, 11abagwanira okuzibibwanga eminwa; kubanga abo niibo abasanikira enyumba enamba nga bayigiriza ebitabagwaniire, olw'amagoba ag'obukuusa:12Omumu ku ibo, nabbi waabwe ibo, yakobere nti Abakuleeti babbeeya enaku gyonagyona, ensolo embibbi, ebida ebigayaavu. 13Okutegeeza okwo kwa mazima. Kyova obabogoleranga n'obukambwe, kaisi babbe n'obulamu olw'okwikirirya 14balekenga okuwulira enfumu egy'obubbeeyi egy'Ekiyudaaya n'ebiragiro by'abantu abakyuka okuleka amazima.15Eri abalongoofu byonabyona birongoofu: naye abasiigibwa obugwagwa n'abataikirirya eri abo wabula kirongoofu; naye amagezi gaabwe era n'omwoyo byasiigiibwe obugwagwa. 16Batyama nga bamaite Katonda; naye mu bikolwa byabwe bamwegaana, kubanga bagwagwa era abatawulira era abatasiimibwa mu buli kikolwa kyonakyona ekisa
1Naye iwe tumulanga ebisaanira okuyigiriza okw'obulamu: 2abasaiza abakaire balekenga okubba batamiivu, nga balimu ekitiibwa, nga beegendereza nga balina obulamu olw'okwikirirya, olw'okutaka, olw'okugumiikiriza:3v3 n'abakali abakaire batyo mu kifaananyi kyabwe nga beewombeeka, ti abawaayiriza, so ti abafugibwa omwenge omungi, abayigiriza ebisa; 4kaisi beegenderezesienga abakali abatobato okutakagananga baibawabwe, okutakagananga abaana baabwe, 5okwegenderezanga, okuba n'obulongoofu, okukolanga emirimu mu nyumba gyaabwe, okubba n'ekisa, okugonderanga baibawabwe, ekigambo kya Katonda kirekenga okuvumibwa:6n'abavubuka batyo obabuuliriranga okwegendereza: 7mu bigambo byonabyona nga weeraganga ng'ekyokuboneraku eky'ebikolwa ebisa; mu kuyigiriza kwo ng'olaganga obugolokofu, okubbaamu ekitiibwa, 8ebigambo eby'obulamu ebitanenyezeka; oyo atali ku lulwo kaisi akwatibwenga ensoni, nga abula kibbiibi kyo kututumulaku.9Buuliriranga abaidu okugonderanga bakama baabwe, okusiimibwanga mu byonabyona, obutatongananga; 10obutaibbanga, naye okulaganga obwesigwa obusa bwonabwona; kaisi bayonjenga okuyigiriza kw'Omulokozi waisu Katonda mu byonabyona.11Kubanga ekisa kya Katonda kibonekere, nga kireetera abantu bonabona obulokozi, 12nga kitubuulirira okugaananga obutatya Katonda n'okwegomba okw'omu nsi, kaisi tubbenga abalamu mu mirembe egya atyanu mu kwegendereza n'obutuukirivu n'okutya Katonda, 13nga tulindirira eisuubi ery'omukisa n'okuboneka kw'ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waisu Yesu Kristo;14eyeewaireyo ku lwaisu, kaisi atununule mu bujeemu bwonabwona, era yeerongooserye eigwanga ery'envuma, erinyiikirira ebikolwa ebisa.15Tumulanga ebyo, obibuulirirenga, onenyenga n'obuyinza bwonabwona, Omuntu yenayena takunyoomanga.
1Obaijukiryenga okugonderanga abafuga n'abalina obuyinza, okuwuliranga, okweteekerateekeranga buli kikolwa kyonakyona ekisa, 2obutavumanga muntu yenayena, obutalwananga, okwewombeekanga, nga balaga obwikaikamu bwonabwona eri abantu bonabona.3Kubanga era feena eira twabbaire basirusiru, abatawulira, ababbeyebwa, nga tuweereza okwegomba n'ebinyumu ebitali bimu, nga tubba mu itima n'eiyali, abeekyayisya, era nga tukyawagana.4Naye obusa bw'Omulokozi waisu Katonda n'okutaka kwe eri abantu bwe byabonekere, 5n'atulokola, ti lwa bikolwa eby'omu butuukirivu bye twakolere ife wabula olw'okusaasira kwe, olw'okunabibwa okw'okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri n'okufuulibwa abayaka Omwoyo Omutukuvu,6gwe yatufukireku olw'obugaiga, ku bwa Yesu Kristo Omulokozi waisu; 7nga tumalire okuweebwa obutuukirivu olw'ekisa kye oyo, kaisi tufuuke abasika mu kusuubira obulamu obutawaawo.8Ekigambo kino kyesigwa, ne ku bino ntaka iwe okukakasiryanga kimu, abaikirirya Katonda baijukirenga okuteekaku omwoyo ku bikolwa ebisa. Ebyo bisa, era bigasa abantu:9naye empaka egy'obusiru n'ebitabo ebirimu endyo gy'okuzaalibwa n'enyombo n'okuwakanira amateeka obyewalenga; kubanga bibulaku kye bigasa so bibulamu. 10Omuntu omukyamu, bw'omalanga okumubuulirira omulundi ogw'oluberyeberye n'ogw'okubiri, omugaananga, 11ng'omanya ng'ali ng'oyo akyamizibwa, era ayonoona, nga yeesalira yenka omusango.12Bwe ntumanga Atema gy'oli oba Tukiko, fuba okwiza gye ndi mu Nikopoli: kubanga nteeserye okumalira eyo ebiseera eby'empewo. 13Fuba okubasibirira Zeena ow'amateeka ne Apolo, baleke okubulwa ekintu.14Era abaisu bayege okuteekangaku omwoyo ku bikolwa ebisa mu bigambo ebyetaagibwa, balemenga obutabala.15Abali nanze bonabona bakusugiirye. Osugirye abatutaka mu kwikirirya. Ekisa kibbenga naimwe mwenamwena.
1Pawulo, omusibe wa Kristo Yesu ne Timoseewo ow'oluganda, eri Firemooni omutakibwa era omukozi waisu, 2ne Apofiya ow'oluganda ne Alukipo mulwani munaisu, n'ekanisa eri mu nyumba yo: 3ekisa n'emirembe ebiva eri Katonda Itawaisu ne Mukama waisu Yesu Kristo bibbenga gye muli.4Neebalya Katonda wange enaku gyonagyona, nga nkutumulaku mu kusaba kwange, 5bwe nawuliire okutaka kwo n'okwikirirya kw'olina eri Mukama waisu Yesu n'eri abatukuvu bonabona; 6okwikirirya ekimu okw'okwikirirya kwo Kaisi kukolenga omulimu, mu kutegeerera kimu buli kigambo ekisa ekiri mu imwe, olwa Kristo. 7Kubanga najaguzire inu ne nsanyuka olw'okutaka kwo, kubanga emyoyo gy'abatukuvu wagiwumwirye, ow'oluganda.8Kale, waire nga nina obuvumu bwonabwona mu Kristo okukulagira ekisaana, 9naye olw'okutaka nkwegayirira bwegayiriri, kuba nfaanana nga bwe ndi, Pawulo omukaire, era atyanu omusibe wa Kristo Yesu:10nkwegayirira olw'omwana wange, gwe nazaalire mu busibe bwange, Onnessimo, 11ateyakugasanga eira, naye atyanu atugasa iwe nanze: 12gwe ngirya gy'oli omwene, iye niigwo mwoyo gwange: 13nze gwe mbaire ntaka okubba naye gye ndi, kaisi ampeereryenga mu kifo kyo mu busibe bw'enjiri:14naye tinatakire kukola kigambo nga toteeserye, kusa ibwo buleke okubba mu kuwalirizibwa, wabula mu kutaka. 15Kubanga kweizi kyeyaviire nayawukana naiwe ekiseera, kaisi obbenga naye emirembe n'emirembe; 16nga takaali mwidu kabite, naye okusinga omwidu, ow'oluganda omutakibwa, okusinga einu gye ndi, naye okusingira kimu eri iwe mu mubiri era ne mu Mukama waisu.17Kale oba ng'ondowooza nze okubba mwinawo, musemberye oyo nga nze. 18Naye oba nga yakwonoonere oba abanjibwa, mbalira nze ekyo; 19nze Pawulo mpandiikire n'omukono gwange, nze ndisasula: ndeke okukukoba nga nkubanja era weena wenka kabite. 20Kale, ow'oluganda, onsanyusie mu Mukama waisu: owumulye omwoyo gwange mu Kristo.21Nkuwandikiire nga neesiga obugonvu bwo, nga maite ng'olikola era okusinga bye ntumula. 22Naye era ate onongoosererye aw'okugona: kubanga nsuubira olw'okusaba kwanyu muliweebwa okumbona.23Epafula musibe munange mu Kristo Yesu, akusugiirye; 24ne Mako, Alisutaluuko, Dema, Luka, bakozi banange. 25Ekisa kya Mukama waisu Yesu Kristo kibbenga n'omwoyo gwanyu. Amiina.
1Katonda eira bwe yatumulanga mu bitundu ebingi ne mu ngeri enyingi eri bazeiza baisu mu banabbi, 2mu naku gino egy'oluvanyuma yatumuliire naife mu Mwana, gwe yatekerewo okubba omusika wa byonabyona, era gwe yatondeirye ebintu byonabyona; 3oyo bw'ali okumasamasa kw'ekitiibwa kye n'ekifaananyi kye dala bw'ali, era bw'asitula ebintu byonabyona n'ekigambo eky'obuyinza bwe, bwe yamalire okukola eky'okunaabya ebibbiibi, n'atyama ku mukono omuliiro ogw'Obukulu waigulu;4ng'asinga obusa bamalayika ati nga bwe yasikiire eriina eribasinga ibo. 5Kubanga yani ku bamalayika gwe yakobeireku nti iwe oli Mwana wange, atyanu nkuzaire iwe? era ate nti Nze naabbanga Itaaye gy'ali, Yeena yabbanga Mwana gye ndi?6Era ate bw'aleeta omuberyeberye mu nsi, atumula nti Era bamalayika ba Katonda bonabona bamusinzenga. 7Era atumula ku bamalayika nti Afuula bamalayika be empewo, N'abaweereza be enimi gy'omusyo:8naye ku Mwana atumula nti Entebe yo, ai Katonda, yo lubeerera emirembe n'emirembe; N'omwigo ogw'obugolokofu niigwo mwigo ogw'obwakabaka bwo. 9Watakire obutuukirivu, n'okyawa obujeemu; Katonda, Katonda wo, kyaviire akufukaku Amafuta ag'okusanyuka okusinga bainawo.10Era nti, Mukama, ku luberyeberye watekerewo emisingi gy'ensi, N'eigulu mulimu gwe mikono gyo: 11Ebyo biriwaawo; naye iwe oliwo lubeerera: N'ebyo byonabyona birikairiwa ng'ekivaalo; 12Era olibizinga ng'eisuuka, Ng'ekivaalo, ne biwaanyisibwa: Naye iwe obba bumu, N'emyaka gyo tegiriwaawo.13Naye ku malayika ki gwe yatumwireku nti Tyama ku mukono gwange muliiro, Okutuusia lwe ndifuula abalabe bo entebe y'ebigere byo? 14Bonabona ti niigyo emyoyo egiweereza, nga gitumibwa okuweereza olw'abo abaaba okusikira obulokozi?
11 Kyekiviire kitugwanira okusinga einu okulowoozerya dala ebyawuliirwe, kabbekasinge twaba ne tubivaaku.2Kuba oba ng'ekigambo ekyatumwirwe bamalayika kyanyweire, na buli kyonoono n'obutawulira byaweebwanga empeera ey'ensonga; 3ife tuliwona tutya bwe tulireka obulokozi obukulu obwenkana awo? obwo obwasookere okwogerwa Mukama waisu, kaisi ne bututegeerezebwa dala abaabuwuliire; 4era Katonda ng'ategeerezia wamu nabo mu bubonero ne mu by'amagero era ne mu by'amaani ebitali bimu era ne mu birabo eby'Omwoyo Omutukuvu, nga bwe yatakanga Yenka.5Kubanga bamalayika ti niibo be yafugirye ensi eyaba okubbaawo, gye tutumulaku. 6Naye waliwo ekifo omumu we yategeerezeirye, ng'atumula nti Omuntu kiki, iwe okumwijukira? Oba omwana w'omuntu, iwe okumwijukira?7Wamukolere okubulaku katono okubba nga bamalayika; Wamuteekereku engule ey'ekitiibwa n'eitendo, N'omufugya emirimu egy'emikono gyo: 8Wateekere ebintu byonabyona wansi w'ebigere bye. Kubanga mu kuteeka ebintu byonabyona wansi we teyatoireku kintu obutakiteeka wansi we. Naye atyanu tukaali kubona bintu byonabyona nga biteekeibwe wansi we.9Naye tulingilira oyo eyakoleibwe okubulaku akatono okubba nga bamalayika, niiye Yesu, olw'okubonaabona okw'okufa ng'ateekebwaku engule ey'ekitiibwa n'eitendo, olw'ekisa kya Katonda kaisi alege ku kufa ku lwa buli muntu. 10Kubanga kyamusaaniire oyo ebintu byonabyona bwe biri ku bubwe era eyabikozeserye byonabyona, ng'aleeta abaana abangi mu kitiibwa, okutuukiriya omukulu w'obulokozi bwabwe olw'ebibonoobono.11Kubanga oyo atukuza era n'abo abatukuzibwa b'omumu bonabona: kyava aleka okukwatibwa ensoni okubeetanga ab'oluganda, 12ng'atumula nti Ndikobera bagande bange eriina lyo, Ndikwemba wakati mu ikuŋŋaaniro.13Era ate nti Nze naamwesiganga oyo. Era ate nti Bona nze n'abaana Katonda be yampaire. 14Kale kubanga abaana bagaita omusaayi n'omubiri, era naye mwene atyo yagaitiire ebyo; olw'okufa kaisi azikirirye oyo eyabbaire n'amaani ag'okufa, niiye Setaani; 15era kaisi abawe eidembe abo bonabona abali mu bwidu obulamu bwabwe bwonabwona olw'entiisia y'okufa.16Kubanga mazima bamalayika ti b'ayamba, naye ayamba izaire lya Ibulayimu. 17Kyekyaviire kimugwanira mu byonabyona okufaananyizibwa bagande, kaisi abbenga kabona asinga obukulu ow'ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda, olw'okutangirira ebibbiibi by'abantu. 18Kubanga olw'okubonyaabonyezebwa iye mweene ng'akemebwa, kyava asobola okubayamba abo abakemebwa.
1Kale, ab'oluganda abatukuvu, abalina omugabo mu kwetebwa okw'omu igulu, mulowooze Omutume era Kabona Asinga Obukulu ow'eidiini gwe twatula, Yesu; 2eyabbaire omwesigwa eri oyo eyamulondere, era nga Musa bwe yabbaire omwesigwa mu nyumba ye yonayona. 3Kubanga oyo asaanyizibwa ekitiibwa ekingi okusinga Musa, ng'azimba enyumba bw'abba n'eitendo eringi okusinga enyumba. 4Kubanga buli nyumba wabbaawo agizimba; naye eyazimbire byonabyona niiye Katonda.5No Musa yabbaire mwesigwa iye mu nyumba ye yonayona ng'omwidu, olw'okutegeeza ebyabbaire byaba okutumulwa; 6naye Kristo yabbaire mwesigwa iye ng'omwana ku nyumba ye; naife tuli nyumba y'oyo, oba nga twakwatiranga dala obuvumu bwaisu n'okwenyumirizia okw'okusuubira kwaisu nga binyweire okutuusia enkomerero.7Kale, nga Omwoyo Omutukuvu bw'atumula nti atyanu bwe mwawulira eidoboozi lye, 8Temukakanyalya mwoyo gyanyu, nga mu kusunguwalibwa, nga ku lunaku olw'okukemerwa mu idungu,9Bazeiza banyu kwe bankemere, nga baaba, Ne babona ebikolwa byange emyaka ana. 10Kyenaviire nyiigira emirembe egyo, Ne ntumula nti Bakyama buliijo mu mwoyo gwabwe: Naye abo tebaategeera mangira gange; 11Nga bwe nalayire mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwumulo kyange.12Mwekuume, ab'oluganda, omwoyo omubbiibi ogw'obutaikirirya gulekenga okubba mu muntu yenayena ku imwe, olw'okuva ku Katonda omulamu: 13naye mubuuliraganenga buliijo buliijo, okutuusia ekiseera nga kikaali kiriwo ekyetebwa ekya atyanu; omuntu yenayena ku imwe alekenga okukakanyalibwa n'obubbeyi bw'ekibbiibi:14kubanga twafuukiire abaikirirya ekimu mu Kristo, oba nga twakwatibwanga dala okusuubira kwaisu okusookere nga kugumire okutuusia enkomerero: 15nga bwe kikaali kitumulwa nti Atyanu bwe mwawulira eidoboozi lye, Temukakanyalya mwoyo gyanyu, nga mu kusunguwazibwa.16Kubanga baani bwe baawulira abaamusunguwala? ti abo bonabona abaava mu Misiri ne Musa? 17Era baani be yanyiigiranga emyaka ana? ti abo abaayonoonere, n'emirambo gyabwe ne gigwa mu idungu? 18Era baani be yalayiriire obutayingira mu kiwumulo kye, wabula obo abataagonda? 19Era tubona nga tebasoboire kuyingira olw'obutaikirirya.
1Kale tutyenga nti okusuubizia okw'okuyingira mu kiwumulo nga bwe kukaali kutulekeirwe, omuntu yenayena ku imwe aleke kuboneka nga takutuukireku. 2Kubanga feena twabuuliirwe njiri, era nga ibo: naye ekigambo eky'okuwulira tekyabagasirye ibo, kubanga tebaagaitibwe mu kwikiriya awamu n'abo abaawulira.3Kubanga ife abaamalire okwikirirya tuyingira mu kiwummulo ekyo; nga bwe yatumwire nti Nga bwe nalayiririre mu busungu bwange, Nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange: waire ng'emirimu gyaweire okuva mu kutondebwa kw'ensi. 4Kubanga waliwo w'atumula ku lunaku olw'omusanvu ati, nti Katonda n'awumulira ku lunaku lw'omusanvu mu mirimu gye gyonagyona; 5era ate ne mu kino nti Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.6Kale kubanga kisigaireyo abandi okukiyingiramu, n'abo abaasookeire okubuulirwa, enjiri ne batayingira olw'obutagonda, 7nate ayawula olunaku gundi, ng'atumulira mu Dawudi oluvanyuma lw'ebiseera ebingi biti, nti Leero, nga bwe kitumwirwe oluberyeberye, Atyanu bwe mwawulira eidoboozi lye, Temukakanyalya myoyo gyanyu.8Kuba singa Yoswa yabawumwirye, teyanditumwire ku lunaku lundi oluvanyuma lw'ebyo. 9Kale wasigaireyo ekiwumulo kya sabbiiti eri abantu ba Katonda. 10Kubanga ayingiire mu kiwumulo kye, era naye ng'awumwire mu mirimu gye, nga Katonda bwe yawumwire mu gigye. 11Kale tufubenga okuyingira mu kiwumulo ekyo, omuntu yenayena aleke okugwa mu ngeri eyo ey'obutagonda.12Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, era kisala okusinga buli kitala kyonakyona eky'obwogi obubiri, era kibitamu n'okwawula ne kyawula obulamu n'omwoyo, enyingo n'obusomyo, era kyangu okwawula okulowooza n'okufumiintiriza okw'omu mu mwoyo. 13So wabula kitonde ekitaboneka mu maiso ge: naye ebintu byonabyona byeruliibwe era bibikuliibwe mu maiso g'oyo gwe tuleetera ebigambo byaisu.14Kale bwe tulina kabona asinga obukulu omunene, eyaviire mu igulu, Yesu Omwana wa Katonda, tunywezienga okwatula kwaisu. 15Kubanga tubula kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naife mu bunafu bwaisu; naye eyakemeibwe mu byonabyona bumu nga ife, so nga iye abula kibbiibi. 16Kale tusemberenga n'obuvumu eri entebe ey'ekisa, kaisi tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa olw'okubbeerwa bwe tukwetaaga.
1Kubanga buli kabona asinga obukulu, bw'atoolebwa mu bantu, ateekebwawo ku bwa bantu mu bigambo ebiri eri Katonda alyoke awengayo ebirabo era ne ssaddaaka olw'ebibbiibi: 2ayinza okukwata empola abatamaite n'abakyamire, kubanga era yeena mweene yeetooloirwe obunafu; 3era olw'obwo kimugwanira nga ku lw'abantu, era kityo ku lulwe mweene, okuwangayo olw'ebibbiibi.4So omuntu yenayena teyeetwalira yenka kitiibwa ekyo, wabula ng'ayeteibwe Katonda, era nga Alooni. 5Era atyo Kristo teyeegulumizirye yenka okufuuka kabona asinga obukulu, wabula oyo eyamukobere nti Iwe oli Mwana wange, Atyanu nkuzaire iwe:6era nga bw'atumula awandi nti Iwe oli kabona emirembe gyonagyona ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri7Oyo mu naku gye yabbangamu mu mubiri gwe, bwe yawaireyo okwegayirira n'okusaba eri oyo eyasoboire okumulokola mu kufa n'okukunga einu n'amaliga, era bwe yawuliirwe olw'okutya kwe Katonda, 8waire nga Mwana, yeena yayegere okugonda olw'ebyo bye yaboineboine:9awo bwe yamalire okutuukirizibwa, n'afuuka ensonga y'obulokozi obutawaawo eri abo bonabona abamuwulira; 10Katonda gwe yayetere kabona asinga obukulu ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri. 11Gwe tulinaku ebigambo ebingi okwogera era ebizibu okutegeeza, kubanga mufuukire baigavu b'amatu.12Kubanga bwe kibagwaniire okubbanga abegeresya olw'ebiseera ebyabitire, mwetaaga ate omuntu okubegeresya ebisookerwaku eby'oluberyeberye eby'ebigambo bya Katonda; era mufukire abeetaaga amata, so ti mere ngumu. 13Kubanga buli anywa amata nga akaali kumanya kigambo ky'obutuukirivu; kubanga mwana mutomuto. 14Naye emere enfumu ya bakulu, abalina amagezi agegeresebwa olw'okugakozesia okwa wulanga obusa n'obubbiibi.
1Kale tuleke okutumula ku bigambo eby'oluberyeberye ebya Kristo, tubitirire okutuuka mu bukulu; obutateekawo mulundi gwo kubiri musingi, niikwo kwenenya ebikolwa ebifu, n'okwikirirya eri Katonda, 2okwegeresya okw'okubatiza, n'okuteekaku emikono, n'okuzuukira kw'abafu, n'omusango ogutawaawo. 3Era bwe twakola tutyo Katonda bweyataka.4Kubanga abo abamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky'omu igulu, ne bafuuka abaikirirya ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, 5ne balega ku kigambo ekisa ekya Katonda ne ku maani ag'emirembe egyaaba okwiza, 6ne bagwa okubivaamu, tekisoboka ibo okubairya obuyaka olw'okwenenya; nga beekomererera bonka omulundi ogw'okubiri Omwana wa Katonda, ne bamukwatisia ensoni mu lwatu.7Kubanga ensi enywa amaizi agagitonyaku emirundi emingi, n'ebala eiva eribasaanira abo b'erimirwa, efuna omugabo gw'omukisa eri Katonda: 8naye bw'ebala amawa ne sere, tesiimibwa era eri kumpi n'okukolimirwa; enkomerero yaayo kwokyebwa9Naye, abatakibwa, twetegereza ku imwe ebigambo ebisinga ebyo obusa era ebiri okumpi n'obulokozi, waire nga tutumwire tutyo: 10kubanga Katonda omutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwanyu n'okutaka kwe mwalagire eri eriina lye, bwe mwaweerezerye abatukuvu, era mukaali muweereza.11Era tutaka inu buli muntu ku imwe okulaganga obunyiikivu obwo olw'okwetegerereza dala eisuubi eryo okutuusia ku nkomerero: 12mulekenga okubba abagayaavu, naye abasengererya abo olw'okwikirirya n'okuguminkirizia abasikira Ebyasuubiziibwe.13Kubanga, Katonda bwe yasuubizirye Ibulayimu, bwe watabbaire gw'asobola kulayira amusinga obukulu, ne yeerayira yenka 14ng'atumula nti Mazima okuwa omukisa naakuwanga omukisa, n'okwalya naakwazanga. 15Atyo bwe yamalire okugumiinkirizia n'aweebwa ekyasuubiziibwe.16Kubanga abantu balayira asinga obukulu: ne mu mpaka gyabwe gyonagyona ekirayiro niikyo kisalawo okukakasia. 17Katonda kyeyaviire ateeka wakati ekirayiro, ng'ataka okubooleserya dala einu abasika ab'ekyasuubiziibwe okuteesia kwe bwe kutaijulukuka: 18olw'ebigambo ebibiri ebitaijulukuka, Katonda by'atayinza kubbeyeramu, kaisi tubbenga n'ekitugumya ekinywevu ife abairuka okusagira ekyegisiro okunywezia eisuubi eryateekeibwe mu maiso gaisu;19lye tulina ng'ekuusa ery'obulamu, eisuubi eritabuusibwabuusibwa era erinywevu era eriyingira mukati w'eijiji. 20Yesu mwe yayingiire omukulembeze ku lwaisu, bwe yafuukire kabona asinga obukulu emirembe gyonagyona ng'engeri ya Merukizedeeki bw'eri.
1Kubanga Merukizedeeki oyo kabaka w’e Saalemi, kabona wa Katonda Ali waigulu einu, eyasisinkanire Ibulayimu ng'aira ng'ava okwita bakabaka, n'amusabira omukisa, 2era Ibulayimu gwe yagabiire ekitundu eky'eikumi ekye byonabyona (eky'oluberyeberye, mu kutegeezebwa, kabaka wo butuukirivu, era eky'okubiri, kabaka w'e Saalemi, niiye kabaka ow'emirembe; 3abula Itaaye, abula Maye, abula bazeizabe, abula lunaku lwe yasookeireku waire enkomerero y'obulamu, naye eyafaananyiziibwe Omwana wa Katonda), abba kabona ow'olubeerera enaku gy'onagyona,4Kale mulowooze omuntu oyo bwe yabbaire omukulu, Ibulayimu zeiza omukulu gwe yawaire ekitundu eky'eikumi ku munyago ogw'okwebonaanya. 5N'abo ab'omu baana ba Leevi abaaweweibwe obwakabona amateeka gabalagira okusoloozianga ebitundu eby'eikumi mu bantu, niibo bagande baabwe, waire ng'abo bava mu ntumbu gya Ibulayimu: 6naye oyo, atabaliibwe mu kika kyabwe, yasoloozere Ibulayimu n'asabira omukisa mwene byasuubiziibwe.7Naye, tekyegaanika n'akatono, omutomuto yasabiirwe omukulu omukisa. 8Era mu ekyo abaweweibwe ebitundu eby'eikumi niibo bantu abaafiirire; naye mu kidi abiweebwa iye oyo ategeezebwa nga mulamu. 9Era, okutumula kuti, ne Leevi, aweebwa omusolo, yaguwereireyo mu Ibulayimu; 10kubanga yabbaire akaali mu ntumbu gya gya zeizawe, Merukizeideeki bwe yamusisinkanire.11Kale okutuukirira singa kwabbairewo lwo bwakabona obw'Ekileevi (kubanga abantu baaweweibwe amateeka mu biseera byabwo), kiki ekyetaagya ate kabona ow'okubiri okuyimuka mu ngeri ya Merukizedeeki, n'atabalirwa mu ngeri ya Alooni? 12Kubanga obwakabona bwe buwaaayisibwa, era n'amateeka tegalema kuwaanyisibwa.13Kubanga oyo eyatumwirweku ebigambo ebyo we kika kindi omutavanga muntu yenayena eyabbaire aweererya ku kyoto. 14Kubanga kitegeerekekere nga Mukama waisu yaviire mu Yuda; ekika Musa ky'atatumulaku mu bigambo bya bakabona15N'ebyo byatumula einu okutegeerekeka, oba nga ayimuka kabona ow'okubiri ng'ekifaananyi kya Merukizedeeki bwe kiri, 16atalondeibwe ng'amateeka bwe gali agalimu ekiragiro ky'omubiri, wabula ng'amaani bwe gali ag'obulamu obutakutuka: 17kubanga ategeezebwa nti Odi kabona okutuusia emirembe gyonagyona Ng'engeri ya Merukizedeeki bw'eri.18Kubanga ekiragiro ekyasookere kijulukuka olw'obunafu n'obutagasia bwakyo 19(kubanga amateeka gabulaku kye gaatuukirirya), eisuubi erisinga obusa ne liyingizibwa, eritusemberesia eri Katonda.20Era bwe wataabulire kulayira kirayiro 21(kubanga ibo baafuulibwa bakabona awabula kirayiro; naye oyo awamu n'ekirayiro yafuuliibwe oyo amutumulaku nti Mukama yalayiire, era talyejusa, nti Odi kabona okutuusia emirembe gyonagyona);22era ne Yesu bwe yafuukire atyo omuyima w'endagaanu esinga obusa. 23Boona bangi baafuulibwa bakabona, kubanga okufa kwabalobeire okubbeereranga: 24naye oyo, kubanga abbaawo okutuusia emirembe gyonagyona, alina obwakabona obutavaawo.25Era kyava asobola okulokolera dala abaiza eri Katonda ku bubwe, kubanga abba mulamu enaku gyonagyona okubawozereryanga. 26Kubanga kabona asinga obukulu afaanana atyo iye yatusaaniire, omutukuvu, abulaku kabbiibi, abulaku ibala, eyayawuliibwe eri abo abalina ebibbiibi, era eyagulumiziibwe okusinga eigulu;27atawaliriziibwe, nga bakabona abasinga obukulu badi, okuwangayo sadaaka buli lunaku, okusooka olw'ebibbiibi bye mwene oluvanyuma olw'ebyo eby'abantu: kubanga okwo yakukoleire dala omulundi gumu, bwe yeewaireyo mwene. 28Kubanga amateeka galonda abantu okubba bakabona abasinga obukulu, abalina obunafu; naye ekigambo eky'ekirayiro, ekyaiririire amateeka, kyalondere Omwana, eyatuukiriziibwe okutuusia emirembe gyonagyona.
1Kale mu bigambo bye tutumwire kino niikyo ekikolo: tulina kabona asinga obukulu, afaanana atyo, eyatyaime ku mukono omuliiro ogw'entebe ey'Obukulu obw'omu igulu, 2omuweereza w'ebitukuvu, era ow'eweema ey'amazima, Mukama gye yasimbire, ti muntu.3Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa olw'omulimu ogw'okuwangayo ebirabo era ne sadaaka: kyekiva kimugwanira n'oyo okubba n'ekintu eky'okuwaayo. 4Kale singa yabbaire ku nsi, teyandibbaire kabona n'akatono, nga waliwo abawaireyo ebirabo ng'amateeka bwe gali; 5abaweereza eby'ekifaananyi n'ekisiikirize eky'ebyo eby'omu igulu, nga Musa bwe yabuuliirwe Katonda, bwe yabbaire ng'ayaba okukola eweema: kubanga atumula nti Tolemanga okukola byonabyona ng'ekyokuboneraku bwe kiri kye walagiibwe ku lusozi.6Naye atyanu aweweibwe okuweereza okusinga okuwooma, era nga bw'ali omubaka w'endagaanu esinga obusa, kubanga yalagaanyiziibwe olw'ebyasuubiziibwe ebisinga obusa. 7Kuba endagaanu edi ey'oluberyeberye singa teyabbaireku kyo kunenyezebwa, tewandinoonyezeibwe ibbanga ery'ey'okubiri.8Kubanga bw'abanenya atumula nti Bona, enaku giiza, bw'atumula Mukama, Bwe ndiragaana endagaano enjaaka n'enyumba ya Isiraeri era n'ennyumba ya Yuda; 9Ti ng'endagaanu gye nalagaanire na bazeiza baabwe Ku lunaku lwe nabakwaite ku mukono okubatoola mu nsi y'Emisiri: Kubanga abo tibagumiire mu ndagaano yange, Nzeena ne mbaleka okubabona, bw'atumula Mukama.10Kubanga eno niiyo ndagaanu gye ndiragaana n'enyumba ya Isiraeri Oluvanyuma lw'ennaku gidi, bw'atumula Mukama; Nditeeka amateeka gange mu magezi gaabwe, Era no ku myoyo gwabwe ndigawandiikaku; Nzeena naabbanga Katonda gye bali, Boona babbanga bantu gye ndi:11So buli muntu tebalyegeresya mwinaye, Na buli muntu mugande, ng'atumula nti Manya Mukama: Kubanga bonabona balimanya, Okuva ku mutomuto okutuuka ku mukulu mu ibo. 12Kubanga ndisaasira obutali butuukirivu bwabwe, N'ebibbiibi byabwe tindibiijukira ate.13Bw'atumula nti Endagaanu enjaaka ey'oluberyeberye abba agikairiyirye. Naye ekikulu era ekikairiwa kiri kumpi n'okuwaawo.
1Era n'endagaano ey'oluberyeberye yabbaire n'empisa egyalagiirwe egy'okusinzanga Katonda, n'ekifo ekitukuvu, eky'omu nsi. 2Kubanga eweema yakoleibwe, ey'oluberyeberye eyabbairemu ekikondo ky'etabaaza n'emeeza n'emigaati egy'okulaga; aweteebwa Awatukuvu.3Era enyuma w'eigigi ery'okubiri yabbaireyo eweema eyetebwa Entukuvu einu; 4eyabbairemu ekyotereryo ekya zaabu; n'esanduuku ey'endagaanu eyabikiibweku zaabu enjuyi gyonagyona, eyabbairemu ekibya ekya zaabu omwabbaire emaanu, n'omwigo gwa Alooni ogwalokere, n'ebipande eby'endagaanu; 5no kungulu ku iyo bakerubi ab'ekitiibwa nga basiikiriza entebe ey'okusaasira; bye tutasobola kutumulaku atyanu kinakimu.6Naye ebyo bwe byakoleibwe bityo, bakabona bayingira mu weema ey'oluberyeberye obutayosya, nga batuukirirya emirimu egy'okuweererya; 7naye mu edi ey'okubiri ayingiramu kabona asinga obukulu yenka, omulundi gumu buli mwaka, ti awabula musaayi, gw'awaayo ku lulwe iye n'olw'obutamanya bw'a bantu.8Omwoyo Omutukuvu ng'ategeeza kino, ng'engira etwala mu kifo ekitukuvu ekaali kubonesebwa, ng'eweema ey'oluberyeberye ekaali eyemereirewo; 9eyo niikyo ekifaananyi olw'ebiseera ebiriwo; ekirimu ebirabo era ne sadaaka ebiweebwayo ebitasobola kumutuukirirya oyo aweereza mu bigambo by'omwoyo, 10kubanga niigyo empisa egyalagiirwe egy'omubiri obubiri (era awamu n'egy'okulya n'egy'okunywa n'egy'okunaaba okutali kumu) egyateekeibwewo okutuusia ku biseera eby'okwira obuyaaka.11Naye Kristo bwe yaizire kabona asinga obukulu ow'ebigambo ebisa ebyaba okwiza, n'abita mu weema esinga obukulu n'okutuukirira, etaakoleibwe ne mikono, amakulu, etali yo mu nsi muno, 12so ti lw'omusaayi gwe mbuli n'enyana, naye lwo musaayi gwe iye, n'ayingirira dala omulundi gumu mu watukuvu, bwe yamaliriire okufuna okununula okutawaawo.13Kuba oba ng'omusaayi gw'embuli n'ente enume n'eikoke ly'ente enduusi, ebimansirwa ku abo abalina empitambibbi, bitukulya okunaabya omubiri; 14omusaayi gwa Kristo, eyeewaireyo yenka olw'Omwoyo atawaawo eri Katonda nga abulaku buleme, tegulisinga inu okunaabya omwoyo gwanyu mu bikolwa ebifu okuweererya Katonda omulamu? 15Era iye kyava abba omubaka w'endagaanu enjaaka, okufa bwe kwabbairewo olw'okununula mu byonoono eby'omu ndagaanu ey'oluberyeberye, abayeteibwe kaisi baweebwe okusuubizia kw'obusika obutawaawo.16Kubanga awabba endagaanu ey'obusika, kigwana okubbaawo okufa kw'oyo eyagiraganire. 17Kubanga endagaanu ey'obusika enywerera awabba okufa: kubanga yabbaire etuukirirya ekyagiragaanisirye eyagiraganire ng'akaali mulamu?18Era n'endagaanu ey'oluberyeberye kyeyaviire ereka okusookebwa awabula musaayi. 19Kubanga buli kiragiro bwe kyamalanga okutumulwa Musa eri abantu bonabona ng'amateeka bwe gali, n'atwalanga omusaayi gw'enyana n'embuli, wamu n'amaizi n'ebyoya by'entama ebimyufu n'ezoobu, n'amansiranga ku kitabo kyeene era ne ku bantu bonabona, 20ng'atumula nti Guno niigwo musaayi gw'endagaanu Katonda gye yabalagiire.21Era ate eweema n'ebintu byonabyona eby'okuweereza n'abimansirangaku omusaayi atyo. 22Era mu mateeka kubulaku katono ebintu byonabyona okunaabibwa omusaayi, era awatabba kuyiwa musaayi tewabbaawo kusonyiyibwa.23Kale ebifaananyi by'ebyo eby'omu igulu kyabigwaniire okunaabibwa n'ebyo, naye eby'omu igulu byene okunaabibwa ne sadaaka egisinga egyo. 24Kubanga Kristo teyayingiire mu kifo ekitukuvu ekyakoleibwe n'emikono ekyafaananire ng'ekyo eky'amazima naye mu igulu mwene, okuboneka atyanu mu maiso ga Katonda, ku lwaisu:25so ti kwewangayo mirundi emingi; nga kabona asinga obukulu bw'ayingira mu kifo ekitukuvu buli mwaka n'omusaayi ogutali gugwe; 26kubanga kyandimugwaniire okubonaabonanga emirundi emingi okuva ku kutondebwa kw'ensi: naye atyanu omulundi gumu ku nkomerero y'emirembe abonekere okutoolawo ekibbiibi olw'okwewaayo mwene.27Era ng'abantu bwe baterekeirwe okufa omulundi ogumu, oluvanyuma lw'okwo musango; 28era ne Kristo atyo, bwe yamaliriire okuweebwayo omulundi ogumu okwetiika ebibbiibi by'abangi, aliboneka omulundi ogw'okubiri awabula kibbiibi eri abo abamulindirira, olw'obulokozi.
1Kubanga amateeka bwe galina ekiwolyo eky'ebisa ebyabbaire byaba okwiza, so ti kifaananyi kyeene eky'ebigambo, ne sadaaka egitaijulukuka, gye bawaireyo obutayosia buli mwaka buli mwaka; tebasoboire enaku gyonagyona kutukirirya abo abagisembereire. 2Kubanga tejandirekeibweyo kuweebwayo kubanga abasinza bwe bamalire okunaabibwa dala omulundi ogumu tebandibbaire na kwetegeeraku bibbiibi ate. 3Naye mu egyo mulimu okwijukilyanga ebibbiibi buli mwaka buli mwaka. 4Kubanga tekisoboka omusaayi gw'ente enume n'embuli okutoolaku ebibbiibi.5Ng'aiza mu nsi, kyava atumula nti Sadaaka n'ebiweebwayo tiwabitakire, Naye wanteekeireteekeire omubiri; 6Tiwasiimire ebyokyebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibbiibi; 7Kaisi nentumula nti bona ngizire (Mu muzingo gw'ekitabo ekyampandiikiibweku) Okukola by'otaka, ai Katonda.8Bw'atumula waigulu nti Sadaaka n'ebiweebwayo n'ebyokebwa ebiramba n'ebiweebwayo olw'ebibbiibi tewabitakire so tewabisiimire (ebyo niibyo biweebwayo ng'amateeka bwe gali), 9kaisi n'atumula nti Bona, ngizire okukola by'otaka. Atoolawo eky'oluberyeberye, kaisi anywezie eky'okubiri. 10Mu ebyo by'ataka twatukuziibwe olw'okuwaayo omubiri gwa Yesu Kristo omulundi gumu.11Na buli kabona ayemerera buli lunaku ng'aweereza ng'awaayo emirundi emingi sadaaaka egitaijulukuka, egitasobola kutoolaku bibbiibi emirembe gyonagyona: 12naye oyo bwe yamalire okuwaayo sadaaka eimu olw'ebibbiibi okutuusia mirembe gyonagyona, kaisi n'atyama mu mukono omuliiro ogwa Katonda; 13ng'alindirira Oluvanyuma abalabe be okufuusibwa entebe y'ebigere bye. 14Kubanga olw'okuwaayo sadaaka eimu yatuukirizirye okutuusia emirembe gyonagyona abatukuzibwa15Era n'Omwoyo Omutukuvu niiye mujulizi gye tuli: kubanga bw'amala okutumula nti 16Eno niiyo endagaano gye ndiragaana nabo Oluvanyuma lw'enaku gidi, bw'atumula Mukama; Nditeeka amateeka gange ku mwoyo gwabwe, Era no ku magezi gaabwe ndigawandiika; kaisi n'atumula nti17N'ebibbiibi byabwe n'obujeemu bwabwe tindibiijukira ate. 18Naye awali okutoolebwaku ebyo, tewakaali kuwangayo sadaaka olw'ekibbiibi.19Kale ab'oluganda, bwe tulina obugumu okuyingira mu kifo ekitukuvu olw'omusaayi gwa Yesu, 20mu ngira gye yatukobeire, enjaaka enamu, ebita mu igigi, niigwo mubiri gwe; 21era bwe tulina kabona omunene afuga enyumba ya Katonda; 22tusemberenga n'omwoyo ogw'amazima olw'okwikirirya okutuukiriire, emyoyo gyaisu nga mansirwaku okutoolamu omwoyo omubbiibi, n'emibiri gyaisu nga ginaabibwa n'amaizi amasa:23tunywezie okwatulanga eisuubi lyaisu obutasagaasagana; kubanga eyasuubizirye mwesigwa: 24era tulowoozaganenga fenka na fenka okukubbirizianga okutaka n'ebikolwa ebisa; 25obutalekanga kukuŋaana wamu, ng'abandi bwe bebitya, naye nga tubuulirira; era nga tweyongeranga okukola ebyo tutyo, nga bwe mubona olunaku ludi nga luli kumpi okutuuka.26Kuba bwe tugenderera okwonoona nga tumalire okuweebwa okutegeera amazima, tewasigaireyo ate sadaaka olw'ebibbiibi, 27wabula okulindirira n'okutya omusango, n'obukambwe obw'omusyo ogwaba okwokya abalabe28Anyooma amateeka ga Musa afa awabula kusaasirwa olw'abajulizi ababiri oba basatu: 29mulowooza mutya, okubonerezebwa oyo kw'alisaanyizibwa kulyenkana waina okusinga okubba okubbiibi eyaniiniriranga dala Omwana wa Katonda, n'alowooza omusaayi gw'endagaanu ogwamutukuzirye obutabba mutukuvu, n'akolera ekyeju Omwoyo ow'ekisa?30Kubanga temumaite oyo eyatumwire nti Eigwanga lyange, nze ndiwalana. Era ate nti Mukama alisalira omusango abantu be. 31Kigambo kye ntiisia okugwa mu mikono gya Katonda omulamu.32Naye mwijukire enaku egy'eira, bwe mwamalire okwakirwa, gye mwagumiinkiririziryemu okufuba okunene okw'ebibonoobono; 33olundi bwe mwafuukire ekiringirirwa olw'ebivumi n'okubona enaku; olundi, bwe mwaikiriirye ekimu n'abo abaakoleirwe ebyo. 34Kubanga mwasaasiire abasibe, era mwagumiinkirizire n'eisanyu okunyagibwaku ebintu byanyu, nga mutegeera nga mulina mwenka ebintu ebisinga obusa era eby'olubeerera.35Kale temusuulanga bugumu bwanyu, obuliku empeera enene. 36Kubanga mwetaaga okugumiinkiriza, bwe mulimala okukola Katonda by'ataka kaisi muweebwe ekyasuubiziibwe. 37Kubanga wakaali wasigaireyo akaseera katono inu, Aiza alituuka, so talirwa.38Naye omutuukirivu wange alibba mulamu lwo kwikirirya: Era bw'airayo enyuma, emeeme yange temusanyukira. 39Naye ife tetuli bo kwira nyuma mu kuzikirira, naye tuli bo kwikirirya olw'okulokola obulamu.
1Okwikirirya niikyo ekinywezia ebisuubirwa niikyo ekitegeezerya dala ebigambo ebitaboneka. 2Kubanga abakaire baategerezeibwe mu okwo. 3Olw'okwikikirirya tutegeera ng'ebintu byonabyona byakoleibwe kigambo kya Katonda, era ekiboneka kyekyaviire kireka okukolebwa okuva mu biboneka4Olw'okwikirirya Abiri yawaire Katonda sadaaka esinga obusa okusinga eya Kayini, eyamutegeezeserye okubba n'obutuukirivu, Katonda bwe yategeerezeirye ku birabo bye: era olw'okwo waire nga yafiire akaali atumula5Olw'okwikirirya, Enoka yatwaliibwe obutabona kufa; n'ataboneka kubanga Katonda yamutwaire: kubanga bwe yabbaire nga akaali kutwalibwa yategeezeibwe okusumibwa Katonda: 6era awatabba kwikiriya tekisoboka kusimiibwa: kubanga aiza eri Katonda kimugwanira okwikirirya nga Katonda aliwo, era nga niiye omugabi w'empeera eri abo abamusagira.7Olw'okwikirirya Nuuwa, bwe yalabwirwe Katonda ku bigambo ebyabbaire bikaali kuboneka, n'atya busa nasiba eryato olw'okulokola enyumba ye; kyeyaviire asalira ensi omusango, nafuuka omusika w'obutuukirivu obuli mu kwikirirya.8Olw'okukkirirya Ibulayimu, bwe yayeteibwe, n'awulira n'okwaba n'ayaba mu kifo kye yabbaire ayaba okuweebwa okubba obusika; n'avaayo nga tamaite gy'ayaba. 9Olw'okwikirirya n'abbanga omugeni mu nsi eyasuubiziibwe, ng'etali yiye, ng'agona mu weema wamu no Isaaka no Yakobo, basika bainaye ab'okusuubizibwa okwo: 10kubanga yalindiriire ekibuga kidi ekirina emisingi, Katonda kye yakubbire kye yazimbire.11Olw'okukkirirya era no Saala mwene n'aweweibwe amaani okubba ekida waire nga yabbaire abitiriire mu myaka, kubanga oyo eyasuubizirye yamulowoozere nga mwesigwa: 12era kyebaaviire bazaalibwa oyo Omumu era eyabbaire ng'afiire, abali ng'emunyenye egy'omu igulu obungi, era ng'omusenyu oguli ku itale ly'enyanza ogutabalika.13Abo bonabona baafiriire mu kwikirirya, nga tebaweweibwe ebyasuubiziibwe, naye nga babirengerera wala, era nga babisugirya, era nga batyama nga bageni era abatambuli ku nsi. 14Kubanga abatumula batyo balaga nga basagira nsi ey'obutaka.15Era singa baijukira ensi edi gye baaviiremu, bandibbaire n'eibbanga okwirayo. 16Naye atyanu beegomba ensi esinga obusa, niiyo y'omu igulu; Katonda kyava aleka okukwatibwa ensoni ku lw'abo, okwetebwanga Katonda waabwe: kubanga yabateekeireteekeire ekibuga.17Olw'okwikirirya Ibulayimu; bwe yakemeibwe, n'awaayo Isaaka; era eyaweweibwe ebyasuubiziibwe n'eisanyu yabbaire ayaba kuwaayo omwana we eyazaaliibwe omumu yenka; 18eyakoleibwe nti Mu Isaaka eizaire lyo mweryayetebwanga: 19bwe yalowoozerye nga Katonda asobola okuzuukizia mu bafu era; era mwe yamuwereirwe mu kifaananyi.20Olw'okwikirirya Isaaka yasabiire omukisa Yakobo ne Esawu, era mu bigambo ebyabbaire byaba okwiza. 21Olw'okwikirirya Yakobo, bwe yabbaire ayaba okufa, yasabiire omukisa abaana ba Yusufu bombiri; n'asinza ng'akutamire ku musa gw'omwigo gwe. 22Olw'okwikirirya Yusufu, bwe yabbaire ng'alikumpi okufa, n'atumula ku kuvaayo kw'abaana ba Isiraeri; n'alagira eby'amagumba ge.23Olw'okwikirirya Musa, bwe yazaaliibwe, abazaire be ne bamugisira emyezi isatu, kubanga baamuboine nga musa; ne batatya kiragiro kya kabaka. 24Olw'okwikirirya Musa, bwe yakulire, n'agaana okwetebwanga omwana wo muwala wa Falaawo; 25ng'asinga okutaka okukolebwanga obubbiibi awamu n'abantu ba Katonda okusinga okubbanga n'okwesiima okw'ekibbiibi okuwaawo amangu; 26ng'alowooza ekivume kya Kristo okubba obugaiga obusinga ebintu by'e Misiri: kubanga yeekalirizire empeera eyo.27Olw'okwikirirya n'aleka Misiri, nga tatya busungu bwa kabaka: kubanga yagumiinkirizirie ng'abona oyo ataboneka. 28Olw'okwikirirya yakolere Okubitaku n'okumansira omusaayi, eyazikirizirye ababeryeberye aleke okubakomaku.29Olw'okwikirirya ne babita mu Nyanza Emyufu nga ku lukalu: Abamisiri bwe baagezeryeku okukola batyo ne basaanyizibwawo. 30Olw'okwikirirya bugwe wa Yeriko n'agwa, nga kimalire okwebbungululirwa enaku musanvu. 31Olw'okwikirirya Lakabu omwenzi oyo teyazikiririire wamu n'abo abataagonda, bwe yasembeirye abakeeti emirembe.32Ntumula ki ate? Kubanga eibbanga lyampwaku bwe natumula ku Gidiyooni, Balaki, Samusooni, Yefusa; ku Dawudi ne Samwiri na banabbi: 33olw'okwikirirya abo niibo bawangwire obwakabaka, niibo abaakola eby'obutuukirivu, niibo abaafuna ebyasuubiziibwe, niibo abaigaire eminwa gy'empologoma, 34niibo abaazikizirye amaani g'omusyo, niibo abairukire obwogi bw'ekitala, niibo abaweweibwe amaani okuva mu bunafu, niibo baafuukire abazira mu ntalo, niibo ababbingire eigye ly'ab'amawanga.35Abakali ne baweebwa abafu baabwe mu kuzuukira: n'abandi ne bayiganyizibwa, nga tebaikirirya kununulibwa, kaisi baweebwe okuzuukira okusinga obusa: 36n'abandi ne bakemebwa nga baduulirwa era nga bakubbibwa, era ate nga basibibwa ne bateekebwa mu ikomera: 37baakubiibwe amabbaale, baasaliibwemu n'emisumeeni, baakemeibwe, baitiibwe n'ekitala: batambulanga nga bavaire amawu g'entama n'ag'embuli; nga babula kantu, nga babonyaabonyezebwa, nga bakolwa obubbiibi 38(ensi beetaasaanira), nga bakyamira mu malungu no ku nsozi no mu mpuku no mu bwina obw'ensi.39N'abo bonabona bwe bamalire okutegeezebwa olw'okwikirirya kwabwe, ne batafuna ekyasuubiziibwe, 40Katonda bwe yatuboneire eira ife ekisinga obusa, ibo baleke okutuukirizibwa ife nga tubulawo.
1Kale feena, bwe tulina olufu lw'abajulizi olwekankana awo olutwetooloire, twambulenga buli ekizitowa n'ekibbiibi ekyegaita naife, twirukenga n'okugumiinkirizia okuwakana okuteekeibwemu maiso gaisu, 2nga tulingirira Yesu yenka omukulu w'okwikirirya kwaisu era omutuukirizia waakwo, olw'eisanyu eryateekeibwe mu maiso ge eyagumiinkirizirye omusalaba, ng'anyooma ensoni, n'atyama ku mukono omuliiro ogw'entebe ya Katonda. 3Kubanga mumulowooze oyo eyagumiinkirizire empaka embibbi egyekankana awo egy'abakolere ebibbiibi ku ibo beene, mulekenga okukoowa, nga mwiririra mu meeme gyanyu.4Mukaali kuwakana okutuusia ku musaayi nga mulwana n'ekibbiibi: 5era mwerabire ekigambo ekibuulirira, ekitumula naimwe ng'abaana nti Mwana wange, tonyoomanga kukangavula kwa Mukama, So toiririranga bw'akunenyanga; 6Kubanga Mukama gw'ataka amukangavula, Era akubba buli mwana gw'aikirirya.7Olw'okukangavulwa kyemwavanga mugumiinkiriza; Katonda abakola ng'abaana; kuba mwana ki Itaaye gw'atakangavula? 8Naye bwe mwabbanga awabula kukangavulwa, okugwana okututuukaku fenafena, muli beebolerezie, so ti baana.9Ate twabbaire n'abaitawaisu ab'omubiri gwaisu abaatukangavulanga, ne tubateekangamu ekitiibwa: tetulisinga inu okugonderanga Itaaye w'emyoyo, ne tubba abalamu? 10Kubanga ibo baatukangavuliranga enaku ti nyingi olw'okwegasa ibo; naye oyo atukangavula olw'okutugasa, kaisi tufune omugabo ku butukuvu bwe. 11Okukakangavulwa kwonakwona mu biseera ebya atyanu tekufaanana nga kwe eisanyu wabula kwe naku: naye oluvanyuma kubala ebibala eby'emirembe eri abo abayigirizibwa mu ikwo; niibyo by'obutuukirivu.12Kale mugololenga emikono egirengeiza, n'amakuumbo agakozimba; 13era mukubbirenga ebigere byanyu amagira amagolokofu, awenyera alekenga okugavaamu, naye awonenga buwoni.14Musengereryenga emirembe eri abantu bonabona, n'obutukuvu, awabula obwo wabula alibona Mukama: 15nga mulingirira inu walekenga okubba omuntu yenayena aweebuuka mu kisa kya Katonda; ekikolo kyonakyona eky'okukaawa kiremenga okuloka n'okubeeraliikirirya, era ne kigwagwawazia abangi; 16walekenga okubba omwenzi, oba atatya Katonda, nga Esawu, eyatundire obusika bwe olw'akaiwulo k'emere akamu. 17Kubanga mumaite nga era oluvanyuma bwe yatakire okusikira omukisa, n'agaanibwa (kubanga teyaboine ibbanga lyo kwenenyelyaamu), waire nga yagusagiire inu n'amaliga.18Kubanga temwizire ku lusozi olukwatibwaku era olwaka n'omusyo, n'eri endikirirya ekwaite zigizigi, ne mbuyaga, 19n'okuvuga kw'eikondeere, n'eidoboozi ly'ebigambo; abaaliwulira ne beegayirira obutayongerwaku kigambo lwo kubiri: 20kubanga tebakisobola ekyalagiirwe nti Waire n'ekisolo bwe kikwata ku lusozi, kirikubbibwa amabbaale: 21n'ebyabonekere byabbaire bye ntiisia biti Musa n'okukoba n'akoba nti Ntiire inu era ntengeire:22naye mwize ku lusozi Sayuuni, ne ku kibuga kya Katonda omulamu, Yerusaalemi eky'omu igulu, n'eri emitwaalo gya bamalayika, 23eri eikuŋaaniro einene era ekanisa ey'ababeryeberye abaawandiikibwe mu igulu, n'eri Katonda Omulamuzi wa bonabona, n'eri emyoyo gy'abatuukirivu abaatuukiriziibwe, 24n'eri Yesu omubaka w'endagaanu enjaaka, n'eri omusaayi ogw'okumansira ogutumula ebisa okusinga ogwa Abbeeri.25Mwekuume obutagaananga atumula. Kubanga badi bwe bataalokokere, bwe baamugaine oyo eyabalabwire ng'ayema mu nsi, ife abakubbire oyo atulabula ng'ayema mu igulu tulisinga inu obutalokoka: 26eyakankanyirye ensi n'eidoboozi lye mu biseera bidi: naye atyanu yasuubizire, ng'atumula nti Ekaali esigaire omulundi gumu ndisisikya, ti nsi yonka, naye era n'eigulu.27N'ekyo, nti Ekaali esigaire omulundi gumu, kitegeeza okutoolebwawo kw'ebyo ebikankanyizibwa, ng'ebitengerebwa, ebitatengerezebwa kaisi bibbeewo. 28Kale, bwe tuweebwa obwakabaka obutatengerezebwa, tubbenga n'ekisa, kituweerezesie okuweereza okusiimibwa Katonda n'okwegenderezia n'okutya: 29kubanga Katonda waisu niigwo musyo ogwokya.
1Okutaka ab'oluganda kubbengawo. 2Temwerabiranga kusembezia bageni: kubanga olw'okwo wabbairewo abaasembezerye bamalayika nga tebamaite.3Mwijukirenga abasibe, ng'abasibirwa awamu nabo; era n'abandi enaku, kubanga mwena muli mu mubiri. 4Okufumbirwagana kwe kitiibwa eri bonabona, n'ekitanda kirongoofu; kubanga abakaba n'abenzi Katonda alibasalira omusango.5Mubbenga n'empisa ey'obutatakanga bintu; bye mulina bibamalenga: kubanga iye yakobere nti Tindikuleka n'akatono, so tindikwabulira n'akatono. 6N'okwaŋanga ni twaŋanga okutumula nti Mukama niiye mubeezi wange; Tinditya: Omuntu alinkola ki?7Mwijukirenga abo abaabafuga, abaababuulira ekigambo kya Katonda; era nga mulingirira enkomerero y'empisa gyanyu, musengereryenga okwikirirya kwabwe. 8Yesu Kristo eizo ne atyanu abba bumu n'okutuusia emirembe n'emirembe.9Temutwalibwatwalibwang'okwegeresya okw'engeri enyingi okuyaaka: kubanga kisa omwoyo okunywezebwa n'ekisa; so ti kunywezebwa ne mpisa egy'okulyanga, ezitagasa abo abagitambuliramu. 10Tulina ekyoto abaweereza eby'omu weema kye batalagiirwe kuliirangaku. 11Kubanga ebisolo bidi, ebitwalibwamu omusaayi gwabyo kabona asinga obukulu mu kifo ekitukuvu olw'ekibbiibi, emibiri gyabyo gyokerwa wanza wo lusiisira.12Era ne Yesu kyeyaviire abonabonera ewanza wa wankaaki, kaisi atukulye abantu n'omusaayi gwe iye. 13Kale tufulume okwaba gy'ali ewanza w'olusiisira nga twetiikire ekivumi kye. 14Kubanga wano tubula kibuga ekibbeererawo, naye tusagira ekyaba okwiza.15Kale mu oyo tuweereyo eri Katonda buliijo sadaaka ey'eitendo, niikyo ekibala eky'eminwa egyatula eriina lye. 16Naye okukola obusa n'okwikaikana temwerabiranga: kubanga sadaaka egiri ng'egyo gisanyusia inu Katonda. 17Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo bamoga olw'obulamu bwanyu, ng'abaliwozia bwe baakola; kaisi bakolenga batyo n'eisanyu so ti na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasirye imwe.18Mutusabirenga: kubanga tumanyiire dala nga tulina omwoyo omusa, nga tutaka okubbanga n'empisa ensa mu byonabyona. 19Era okusinga einu mbeegayirira okukolanga mutyo, kaisi ngirizibwewo mangu gye muli.20Naye Katonda ow'emirembe, eyairiryewo okuva mu bafu omusumba w'entama omukulu olw'omusaayi ogw'endagaano ey'olubeerera, niiye Mukama waisu Yesu, 21abatuukirize mu buli kigambo ekisa okukolanga by'ataka, ng'akolera mu ife ekisiimibwa mu maiso ge, ku bwa Yesu Kristo; aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.22Naye mbabuulirira, ab'oluganda, muguminkirizenga ekigambo eky'okubuulirira: kubanga mbawandiikiire mu bigambo bitono. 23Mumanye nga mugande waisu Timoseewo yalekwirwe; bw'aliiza amangu, ndibabonera wamu naye.24Musugirye bonabona abafuga, n'abatukuvu bonabona. Ab'omu Italiya babasugiirye. 25Ekisa kibbenga naimwe mwenamwena. Amiina.
1Yakobo, omwidu wa Katonda no Mukama waisu Yesu Kristo, eri ebika eikumi n'ebibiri ebyasaansanire, mbasugiirye. 2Mulowoozenga byonabyona okubba eisanyu, bagande bange, bwe mwagwanga mu kukemebwa okutali kumu; 3nga mutegeera ng'okugezebwa kw'okwikirirya kwanyu kuleeta okugumiinkiriza.4Era omulimu gw'okugumiinkiriza gutuukirirenga, kaisi mubbenga abaatuukirira, abalina byonabyona, abataweebuuka mu kigambo kyonakyona. 5Naye oba ng'omuntu yenayena ku imwe aweebuuka mu magezi asabenga Katonda ataima awa bonnabona so takayuka; era galimuweebwa.6Naye asabenga mu kwikirirya, nga abulaku ky'abuusabuusa: kubanga abuusabuusa afaanana ng'eiyengo ery'enyanza eritwalibwa empewo ne lisuukundibwa. 7Kubanga omuntu oyo talowoozanga ng'aliweebwa ekintu kyonakyona eri Mukama waisu 8omuntu ow'emyoyo eibiri, atagumira mu mangira ge gonagona.9Naye ow'oluganda omukopi yeenyumirizienga olw'obukulu bwe: 10era n'omugaiga yeenyumirizienga olw'okukopawala kwe: kubanga aliwaawo ng'ekimuli ky'omwido. 11Kubanga eisana livaayo n'omusana omungi n'eriwotokya omwido; n'ekimuli kyagwo ne kigwa n'obusa bw'ekifaananyi kyagwo ne bigota: era n'omugaiga atyo bw'aliwotoka mu kutambula kwe.12Alina omukisa omuntu agumiinkiriza okukemebwa: kubanga bw'alimala okusiimibwa aliweebwa engule ey'obulamu, Mukama waisu gye yasuubizirye abamutaka. 13Omuntu yenayena bw'akemebwanga, tatumulanga nti Katonda niiye ankemere kubanga Katonda takema no bubi, era iye mwene takema muntu yenayena:14naye buli muntu akemebwa, ng'awalulwa okwegomba kwe iye n'asendebwasendebwa. 15Okwegomba okwo kaisi ne kubba ekida ne kuzaala okwonoona: n'okwonoona okwo, bwe kumala okukula; ne kuzaala okufa. 16Temwebbeyabbeyanga, bagande bange abatakibwa.17Buli kirabo ekisa na buli kitone kituukirivu kiva waigulu, nga kiika okuva eri Itawaisu ow'ebyaka, atayinza kuba no kufuukafuuka waire ekiwolyo eky'okukyuka. 18Olw'okuteesia kwe yatuzaire n'ekigambo eky'amazima, kaisi tubbe ng'omwaka omuberyeberye ogw'ebitonde bye.19Ekyo mukimaite, bagande bange abatakibwa. Naye buli muntu abbenga mwangu wo kuwulira, alwengawo okutumula, alwengawo okusunguwala 20kubanga obusungu bw'omuntu tebukola butuukirivu bwa Katonda. 21Kale muteekenga wala obugwagwa bwonabwona n'obubbiibi obusukiriire, mutoolenga n'obuwombeefu ekigambo ekisigibwa ekisobola okulokola obulamu bwanyu.22Naye mubbenga bakozi be kigambo, so ti bawulizi buwulizi, nga mwebbeyabbeya. 23Kubanga omuntu yenayena bw'abba omuwulizi w'ekigambo, so nga ti mukozi, oyo afaanana ng'omuntu eyebona amaiso ag'obuzaaliranwa bwe mu ndabirwamu: 24kubanga yebona n'ayaba, amangu ago ne yeerabira bw'afaanaine. 25Naye alinga mu mateeka amatuukirivu ag'eidembe n'anyiikiriramu, nga ti muwulizi eyeerabira naye mukozi akola, oyo anaaweebwanga omukisa mu kukola kwe.26Omuntu yenayena bwe yeerowooza nga we idiini, bw'ataziyiza lulimi lwe, naye nga yebbeeya omwoyo gwe eidiini y’oyo ebulaku ky'egasa. 27Eidiini enongoofu ebulamu eiko mu maiso ga Katonda Itawaisu niiyo eno, okulambulanga abafuuzi na banamwandu mu bunaku bwabwe, n'okwekuumanga obutabba na mabala ag'omu nsi.
1Bagande bange, temubanga no kwikirirya kwa Mukama waisu Yesu Kristo ate ne mubba n'okusosolanga mu bantu. 2Kubanga bw'ayingira mu ikuŋaaniro lyanyu omuntu alina empeta eya zaabu avaire eby'obuyonjo, era n'omwavu avaire enziina n'ayingira, 3naimwe ne musangalira avaire ebivaalo eby'obuyonjo, ne mutumula nti Iwe tyama wano awasa era ne mukoba omwavu nti Iwe yemerera edi, oba tyama wansi awali akatebe k'ebigere byange; 4nga temwawukaine mu imwe mwenka, ne mufuuka abasali b'ensonga ab'ebirowoozo ebibbiibi?5Muwulire, bagande bange abatakibwa; Katonda teyalondere abalina obwavu bw'omu nsi okubbanga n'obugaiga obw'okwikirirya, n'okusikira obwakabaka bwe yasuubizirye abamutaka? 6Naye imwe mwanyoomere omwavu. Abagaiga ti niibo babajooga ne babawalula beene awasalirwa emisango? 7Singa bavuma eriina eisa lye mwetebwa?8Naye bwe mubba mutuukirirya eiteeka lino eriri nga kabaka w'amateeka, nga bwe kyawandiikiibwe nti Otakanga muntu mwinawo nga bwe wetaka wenka, mukola kusa. 9Naye bwe mwasosolanga mu bantu, nga mukolere kibbiibi, ne musingibwa amateeka ng’abonoonyi10Kubanga omuntu yenayena bw'abba akwata amateeka gonagona, naye n'asobya mu limu, ng'akolere omusango gwa gonagona. 11Kubanga oyo eyatumwire nti Toyendanga, ate yatumwire nti Toitanga. Kale bw'otayenda naye n'oita, ng'ofuukire mwonooni w'amateeka.12Mwogerenga era mukolenga bwe mutyo ng'abaaba okusalirwa omusango n'amateeka ag'eidembe. 13Kubanga omusango tegubbaaku kusaasirwa eri atasaasiire: okusaasira kujagulizia ku musango.14Kigasa kitya, bagande bange, omuntu bw'atumula ng'alina okwokirirya, naye n'atabba na bikolwa? Okwikirirya okwo kusobola okumulokola? 15Bwe wabbaawo ow'oluganda omusaiza oba mukali nga bali bwereere, ng'emere eya buli lunaku tebamala, 16era omumu ku imwe bw'abakoba nti Mwabe n'emirembe mubugume, mwikute, naye ne mutabawa omubiri bye gwetaaga; kigasa kitya? 17Era n'okwikirirya kutyo, bwe kutabbaaku bikolwa, kwonka nga kufiire.18Naye omuntu alitumula nti Iwe olina okwokirirya, nange nina ebikolwa: ndaga okwikirirya kwo awabula bikolwa byo, nzeena olw'ebikolwa byange ndikulaga okwikirirya kwange. 19Okwirirya nga Katonda ali omumu; okola kusa: era na basetaani baikirirya, ne batengera. 20Naye otaka okutegeera, iwe omuntu abulamu, ng'okwikirirya awabula bikolwa kubulaku kye kugasa?21Ibulayimu zeiza waisu teyaweweibwe butuukirivu lwe bikolwa, kubanga yawaireyo Isaaka omwana we ku kyoto? 22Obona ng'okwikirirya kwakoleire wamu n'ebikolwa bye, era okwikirirya kwe kwatuukiriziibwe olw’ebikolwa bye: 23ekyawandiikibwa ne kituukirira ekitumula nti Ibulayimu n'aikirirya Katonda, ne kumubalirwa okubba obutuukirivu; n'ayetebwa mukwanu gwa Katonda. 24Mubona ng'omuntu aweebwa butuukirivu lwe bikolwa, so ti lwo kwikirirya kwonka.25Era no Lakabu omwenzi atyo teyaweweibwe butuukirivu lwe bikolwa, kubanga yasembezerye ababaka, n'ababitya mu ngira egendi? 26Kuba ng'omubiri awabula mwoyo bwe gubba nga gufiire, era n'okwikirirya kutyo awabula bikolwa nga kufiire.
1Temubbanga begeresya bangi, bagande bange, nga mumaite nga tulisalirwa omusango ogusinga obunene. 2Kubanga mu bingi tusobya fenafena. Omuntu yenayena bw'atasobya mu kigambo, oyo niiye muntu eyatuukiriire, asobola okuziyizia era n'omubiri gwe gwonagwona.3Naye bwe tuteeka ebyoma eby'embalaasi mu minwa gyagyo kaisi gitugonderenga, tuyinza okufuga emibiri gyagyo gyonagyona. 4Bona, era n’amaato, waire nga manene gatyo, era nga gatwalibwa empewo egy'amaanni, enkasi entono einu niiyo egabbinga yonayona omugoba gy'asiima mu kutaka kwe.5Era n’olulimi lutyo niikyo ekitundu ekitono, ne lwenyumirizia inu. Bona, emisaale emingi egyenkaniire awo okwokyebwa akasyo akatono katyo. 6N'olulimi musyo: ensi ey'obubbiibi mu bitundu byaisu niilwo lulimi, olwonoona omubiri gwonagwona, era olukoleezia olupanka lw'ebitonde byonabyona, era olukoleezebwa Geyeena.7Kubanga buli ngeri ey'ensolo n'enyonyi n'ebyewalula n'ebyenyanza bifugika era byafugiibwe abantu: 8naye olulimi wabula muntu asoboka kulufuga; bubbiibi obutasoboka, lwizwire obusagwa obwita.9Olwo niilwo tutenderezesya Mukama waisu niiye Itawaisu; era olwo niilwo lwetulamirya abantu abaakoleibwe mu kifaananyi kya Katonda: 10mu munwa gumu niimwo muva okutendereza n'okulama. Bagande bange, ebyo tekibigwanira kubba bityo.11Ensulo ekulukuta amazzi amalungi n'agakaawa mu liiso erimu? 12Omutiini guyinza, baganda bange, okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? So amazzi ag'omunnyo tegayinza kuvaamu malungi.13Ani alina amagezi n'okutegeera mu mmwe? Alagenga mu mpisa ennungi ebikolwa bye mu magezi amawombeefu. 14Naye bwe muba n'obuggya obukambwe n'okuyomba mu mutima gwammwe, temwenyumirizanga so temulimbanga okuziyiza amazima.15Amagezi gano si ge gakka okuva waggulu, naye ga mu nsi, ga buzaaliranwa, ga Setaani. 16Kubanga awaba obuggya n'okuyomba, we waba okutabuka na buli kikolwa ekibi. 17Naye amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, nate ga mirembe, mawombeefu, mawulize, agajjudde okusaasira n'ebibala ebirungi, agatalina kwawula, agatalina bunnanfuusi. 18Era ekibala eky'obutuukirivu kisigibwa mu mirembe eri abo abaleeta emirembe.
1Entalo giva waina n'okulwana kuva waina mu imwe? Ti muunu, mu kwegomba kwanyu okulwana mu bitundu byanyu? 2Mwegomba so mubula: mwita, era mwegomba, awo temusobola kufuna: mulwana era mutabaala; mubula kubanga temusaba. 3Musaba ne mutaweebwa, kubanga musaba kubbiibi; kaisi mubikolesye okwegomba kwanyu.4Imwe abakali abenzi temumaite ng'omukwanu gw'ensi niibwo bulabe bwa Katonda? Kale, omuntu yenayena bw'ataka okubba omukwanu gw'ensi yeefuula mulabe wa Katonda. 5Oba mulowooza ng'ekyawandiikiibwe kitumula bwereere? Omwoyo gwe yatyamisirye mu ife gwegomba okuleeta eiyali?6Naye yeeyongera okugaba ekisa. Kyekiva kitumula nti Katonda alwana n'ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa. 7Kale mujeemulukukirenga Katonda; naye mulwanenga no Setaani, yeena yabairukanga.8Musembererenga Katonda, yeena yabasembereranga imwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebibbiibi; era mutukulyenga emyoyo gyanyu, imwe abalina emeeme eibiri. 9Munakuwale, mukubbe ebiwoobe, mukunge: okuseka kwanyu kufuuke ebiwoobe, n'eisaayu lifuuke okunakuwala. 10Mwetoowazenga mu maiso ga Mukama waisu, yeena alibagulumizia.11Temutumulaganangaku kubbiibi, ab'oluganda. Atumula kubbiibi ku w'oluganda, obba asalira omusango ow'oluganda, atumula okubbiibi ku mateeka, era asalira musango mateeka: naye bw'osalira omusango amateeka, nga toli mukozi wa mateeka, wabula omusali w'omusango. 12Eyateekerewo amateeka era omusali w'omusango ali mumu, oyo asoboka okulokola n'okuzikirizia, naye iwe asalira omusango mwinawo niiwe ani?13Kale imwe abatumula nti Atyanu oba izo twayaba mu kibuga gundi; tulimalayo omwaka gumu tulitunda tuliviisia amagoba: 14naye nga temutegeera bye izo Obulamu bwanyu buli nga kiki? Muli lufu, oluboneka akaseera akatono, kaisi ne luwaawo:15we mwanditumuliire nti Mukama waisu bw’ataka tuliba balamu, era tulikola tuti oba tuti. 16Naye atyanu mwenyumirizja mu kwekulumbazia kwanyu: okwenyumirizia kwonakwona okuli kutyo kubbiibi. 17Kale amanya okukola kusa n'atakola, niikyo ekibbiibi eri oyo.
1Kale imwe abagaiga, mukunge mulire olw'ennaku egiizaa ku lwanyu. 2Obugaiga bwanyu buvundire, n'ebyambalo byanyu biriiriibwe enyenje. 3Ezaabu yanyu ne feeza gitalagire; n'obutalage bwagyo bulibba mujulizi gye muli, bulirya omubiri gwanyu ng'omusyo. Mwakuŋaanyirye ebintu mu naku egy'enkomerero.4Bona, empeera y'abakozi abaakungula enimiro gy'anyu, gye mulyazaamaanya, ekunga: n'ebiwoobe by'abo abakungula byayingiire mu matu ga Mukama Ow'eigye. 5Mwesanyusya ku nsi, ne muwoomerwa ebinyumu; mwegeizerye mu myoyo gyanyu nga ku lunaku olw'okubbaaga ebya sava. 6Mwasalire omusango okusinga omutuukirivu, ne mumwita; naye tabawakanyirye.7Kale, ab'oluganda, mugumiinkirizenga okutuusia okwiza kwa Mukama waisu. Bona, omulimi alindirira ebibala eby'ensi eby'omuwendo omungi, abigumiinkiriza, okutuusia emaizi ageidumbi na g'eitogo. 8Era mweena mugumiinkirizenga; munywezenga emyoyo gyanyu: kubanga okwiza kwa Mukama waisu kuli kumpi.9Temwemulugunyanga, ab'oluganda, mwenka na mwenka, muleke okusalirwa omusango: bona, omusali w'emisango ayemereire ku lwigi. 10Mutwale ekyokuboneraku, ab'oluganda, eky'okubonyaabonyezebwa n'okugumiinkiriza, banabbi abatumulanga mu liuna lya Mukama. 11Bona, tubeeta bo mukisa abaagumiinkirizanga: mwawuliire okugumiikiriza kwa Yobu, era mwaboine Mukama ku nkomerero bw'akola nga Mukama we kisa kingi n'okusaasira.12Naye okusinga byonabyona, bagande bange temulayiranga waire eigulu, waire ensi, waire ekirayiro ekindi kyonakyona naye ekigambo kyanyu niiwo awo kibbenga niiwo awo, n'ekigambo kyanyu ti niiwo awo kibbenga ti niiwo awo; muleke okugwa mu musango.13Waliwo mu imwe omuntu ali okubbiibi? asabenga. Waliwo asanyuka? ayembenga eby'okutendereza Katonda. 14Waliwo mu imwe omuntu alwaire? ayetenga abakaire b'ekanisa; bamusabirenga, nga bamusiigaku amafuta mu liina lya Mukama waisu: 15n'okusaba kw'okwikirirya kulirokola omulwaire, no Mukama waisu alimuyimusya: era oba nga yakolere ebibbiibi birimutoolebwaku.16Kale mwatuliraganenga ebibbiibi byanyu mwenka na mwenka, musabiraganenga, kaisi muwone. Okusaba kw'omuntu omutuukirivu kusobola inu mu kukola kwakwo. 17Eriya yabbaire muntu eyakwatiibwe byonabyona nga ife, n'asaba inu amaizi ereke okutonya; amaizi n'egatatonya ku nsi emyaka esatu n'emyezi mukaaga. 18N'asaba ate; eigulu ne litonyesya amaizi, ensi n'emelya ebibala byayo.19Bagande bange, omuntu yenayena mu imwe bw'akyamanga okuva mu mazima, omuntu n'amala amukyusya, 20ategeerenga ng'akyusya alina ebibbiibi mu bukyamu obw'engira ye alirokola obulamu mu kufa, era aliboneka ku bibbiibi bingi.
1Peetero, omutume wa Yesu Kristo, eri abalonde abaasaasaanire abatambuli ab'omu Ponto, Galatiya, Kapadokiya, Asiya ne Bisuniya, 2nga bwe yasookere okutegeera Katonda Itawaisu, mu kutukuza kw'Omwoyo, olw'okugonda n'okumansirwaku omusaayi gwa Yesu Kristo: ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli.3Yeebazibwe Katonda era Itawaisu wa Mukama waisu Yesu Kristo, eyatuzaire omulundi ogw'okubiri, ng'okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubbenga n'eisuubi eiramu, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu, 4tuyingire mu busika obutawaawo, obubula eiko, obutawotoka, obwabagisiibwe imwe mu igulu, 5amaani ga Katonda be gakuuma olw'okwikirirya okufuna obulokozi obweteekereteekere okubikuliwa mu biseera eby'enkomerero.6Obwo niibwo bwe mujagulizaamu, waire nga mwanakuwaziibwe mu kukemebwa okutali kumu akaseera akatono (akadidiiri) kano, oba nga kibagwanira, 7okugezebwa kw'okwikirirya kwanyu okusinga omuwendo ezaabu ewaawo, waire ng'egezebwa mu musyo, kaisi kuboneke okuleeta eitendo n'ekitiibwa n'okugulumizibwa Yesu Kristo bw'alibikuliwa:8gwe mutaka nga tukaali kumubona: gwe mukaali atyanu naye mumwikirirya, ne mujaguza eisanyu eritatumulikika, eririna ekitiibwa: 9nga muweebwa ekyabaikirizisirye, niibwo bulokozi bw'obulamu. 10Eby'obulokozi obwo banabi abalagulanga eby'ekisa ekyabbaire kyaba okwiza gye muli basagiranga inu ne bekeneenyanga:11nga basagira ebiseera bwe biri oba bwe bifaanana Omwoyo wa Kristo eyabbaire mu ibo bye yalagire, ng'asooka okutegeeza ebibonoobono bya Kristo, n'ekitiibwa ekibisengererya. 12Boona babikuliiwe nga ti ku lwabwe bonka wabula ku lwanyu baweerezerye ebyo bye mwakabikuliwa atyanu abo ababakobera enjiri mu Mwoyo Omutukuvu eyatumiibwe okuva mu igulu; bamalayika bye beegomba okulingizia13Kale musibenga ebimyu by'amagezi ganyu, mutamiirukukenga, musuubirirenga dala ekisa ekiribaleeterwa Yesu Kristo bw'alibikuliwa; 14ng'abaana abagonda, nga temwefaananya okwegomba okw'eira okw'omu butamanya bwanyu:15naye ng'oyo eyabetere bw'ali omutukuvu era mwena mubbenga batukuvu mu mpisa gyonagyona; 16kubanga kyawandiikibwe nti Mwabbanga batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu. 17Era bwe mumwetanga Itawanyu, asala omusango awabula kusalira ng'omulimu gwa buli muntu bwe guli, mutambulenga n'entiisia mu biseera byanyu eby'okuba abatambuli:18nga mumaite nga temwanunuliibwe na bintu ebiwaawo, feeza oba zaabu, mu mpisa gyanyu egibulamu gye mwaweweibwe bazeiza baanyu; 19wabula n'omusaayi ogw'omuwendo omungi, ng'ogw'omwana gw'entaama ogubulaku buleme waire eibala, niiye Kristo:20eyategeereibwe eira ensi nga gikaali okutondebwa, naye n'abonesebwa ku nkomerero y'ebiseera ku lwanyu, 21abaikirirya ku bubwe Katonda eyamuzuukizirye mu bafu n'amuwa ekitiibwa; okwikirirya kwanyu n'okusuubira kaisi bibbenga mu Katonda.22Kubanga mumalire okwetukuza obulamu bwanyu mu kugondera amazima olw'okutakagananga ab'oluganda okubulamu bunanfuusi, mutakaganenga mu mu myoyo n'okufuba okungi: 23bwe mwazaalibwe omulundi ogw'okubiri, ti ne nsigo ewaawo, wabula etawaawo, n'ekigambo kya Katonda ekiramu eky'olubeerera.24Kubanga Omubiri gwonagwona guli ng'eisubi, N'ekitiibwa kyagwo kyonakyona kiri ng'ekimuli ky'eisubi. Eisubi eriwotoka ekimuli ne kigwa: 25Naye ekigambo kya Mukama kibbaawo emirembe n'emirembe. Era ekyo niikyo ekigambo eky'enjiri eky'abajulizi.
1Kale muteekenga wala obubbiibi bwonabwona n'obukuusa bwonabwona n'obunanfuusi n'eiyali n'okutumula obubbiibi kwonakwona, 2ng'abana abawere abazaalibwa, mwegombenga amata ag'omwoyo agabulamu bubbeyi; kaisi gabakulye okutuuka ku bulokozi 3oba nga rnwalegere ku Mukama waisu bw'ali omusa:4nga mwiza eri oyo, eibbaale eiramu, eryagisibwe abantu, naye eri Katonda eironde, lyo muwendo mungi, 5era mwena ng'amabbaale amalamu muzimbibwa enyumba ey'omwoyo okubbanga bakabona abatukuvu okuwangayo sadaaka egy'omwoyo, egisiimibwa Katonda ku bwa Yesu Kristo.6Kubanga waliwo mu kyawandiikibwa nti bona, nteeka mu Sayuuni eibbaale eikulu ery'oku nsonda, eironde, ery'omuwendo omungi: Era amwikirirya talikwatibwa nsoni.7Kale eri imwe abaikirirya omuwendo mungi: naye eri abataikirirya, Eibbaale abazimbi lye bagaine, eryo niilyo lyafuukire omutwe ogw'oku nsonda; 8era Eibbaale eryesitalwaku, era olwazi olusuula; kubanga beesitala ku kigambo nga tebagonda; era kwe baateekeirwewo.9Naye imwe muli igwanga ironde, bakabona ba kabaka, kika kitukuvu, bantu be nvuma, kaisi mubuulirenga ebisa by'oyo eyababetere okuva mu ndikirirya okuyingira mu kutangaala kwe okw'ekitalo: 10eira abatabbaire igwanga, naye atyanu muli igwanga lya Katonda: ababbaire abatasaasirwa, naye atyanu musaasiirwe.11Abatakibwa, mbeegayirira ng'abatambuli n'abatambuli, okwewalanga okwegomba kw'omubiri okulwana n'obulamu; 12nga mulina empisa gyanyu mu b'amawanga ensa; nga bwe babatumulaku ng'abakola obubbiibi, olw'ebikolwa byanyu ebisa bye babona kaisi bagulumizie Katonda ku lunaku olw'okubonekeramu.13Mugonderenga buli kiragiro ky'abantu ku bwa Mukama waisu: oba kabaka nga niiye asinga bonabona; 14oba abaamasaza, nga b'atumire olw'okukangavulanga abakola obubbiibi, n'olw'okusiimanga abakola obusa. 15Kubanga Katonda ataka atyo, imwe okusirikyanga obutamanya bw'abantu abasirusiru nga mukola obisa: 16ng'ab'eidembe, so ti ng'abalina eidembe lyanyu olw'okukisa obubbiibi, naye ng'abaidu ba Katonda. 17Mutekengamu ekitiibwa abantu bonabona. Mutakenga ab'oluganda. Mutyenga Katonda. Mutekengamu ekitiibwa kabaka.18Abaweereza, mugonderenga bakama banyu mu kutya kwonakwona, ti basa bonka n'abawombeefu, naye era n'abakambwe. 19Kubanga kino niikyo kisiimibwa, omuntu bw'agumiikirizia okulumwa olw'okwijukira Katonda, ng'abonyaabonyezebwa awabula nsonga. 20Kubanga bwe mukola obubbiibi ne mukubbibwa empi, bwe muligumiinkirizia, itendo ki? naye bwe mukola obusa ne mubonyaabonyezebwa, bwe muligumiikirizia, ekyo niikyo kisiimibwa eri Katonda.21Kubanga ekyo kye mwayeteirwe, kubanga era Kristo yabonyaabonyezeibwe ku lwanyu, ng'abalekera ekyokuboneraku, kaisi mutambulirenga mu bigere bye: 22ataakolere kibbiibi, waire obukuusa tegwabonekere mu munwa gwe: 23bwe yavumiibwe, atavumire ate; bwe yabonyaabonyezeibwe, ataikanga; naye yeewaireyo eri oyo asala omusango ogw'ensonga:24eyeetikire iye mwene ebibbiibi byaisu mu mubiri gwe ku musaale, ife nga tumalire okufa ku bibbiibi, kaisi tubbenga abalamu eri obutuukirivu; okukubbibwa kw'oyo niikwo kwabawonyerye. 25Kubanga mwabbaire mukyama ng'entaama; naye atyanu mwirire eri Omusumba era omulabirizi w'obulamu bwanyu.
1Mutyo, abakali, mugonderenga baibawanyu beene; era bwe wabangawo abataikirirya kigambo, kaisi bafunibwenga awabula kigambo olw'empisa gy'abakali baabwe; 2bwe babona empisa gyanyu enongoofu egy'okutya.3Obuyonjo bwanyu tebubanga bwo kungulu, obw'okuluka enziiri n'okunaanika ezaabu n'okuvaala engoye; 4naye omuntu ow'omwoyo ataboneka, mu kivaaalo ekitayonooneka, niigwo mwoyo omuwombeefu omuteefu, niigwo gw'omuwendo omungi mu maiso ga Katonda.5Kubanga batyo eira era n'abakali abatukuvu, abaasuubiranga Katonda, bwe beeyonjanga, nga bagondera baibawabwe beene: 6nga Saala bwe yawulire Ibulayimu, ng'amweta omwami: mwena muli baana b'oyo, bwe mukola obusa ne mutatiisibwa ntiisia yonayona.7Mutyo, Abasaiza, mubbenga n'abakali banyu n'amagezi, nga mutekangamu ekitiibwa omukali ng'ekibya ekisinga obunafu, kubanga boona basika banayu ab'ekisa eky'obulamu; okusaba kwanyu kulekenga okuziyizibwa.8Ekiseembayo, mwenamwena mubbenga n'emeeme imu, abasasiragana, abatakagana ng'ab'oluganda, ab'ekisa, abawombeefu: 9abatawalananga kibbiibi olw'ebibbiibi, oba ekivumi olw'ekivumi; naye obutafaanana ng'ebyo, abasabira omukisa; kubanga ekyo kye mwayeteirwe, kaisi musikire omukisa.10v10 Kubanga Ataka okwegomba obulamu, N'okubona enaku ensa, Aziyizienga olulimi lwe mu bubbiibi, N'eminwa gye girekenga okutumula obukuusa: 11Era yeewalenga obubbiibi, akolenga obusa; Asagirenga emirembe, agisengereryenga. 12Kubanga amaiso ga Mukama gali ku batuukirivu, N'amatu ge gali eri okusaba kwabwe: Naye obweni bwa Mukama buli ku abo abakola obubbiibi.13Era yaani eyabakolanga obubbiibi, bwe mwanyikiranga obusa? 14Naye waire nga mubonyaabonyezebwa olw'obutuukirivu, mulina omukisa: era temutyanga kutiisia kwabwe, so temweraliikiriranga;15naye mutukuzienga Kristo mu myoyo gyanyu okubba Mukama wanyu; nga mweteekateeka bulijjo okwiramu buli muntu ababuulyanga ensonga ey'okusuubira okuli mu imwe, naye n'obuwombeefu n'okutya: 16nga mulina omwoyo omusa; olw'ebyo bye babatumulaku obubbiibi, kaisi bakwatibwenga ensoni abavuma empisa gyanyu ensa egy'omu Kristo. 17Kubanga niikyo ekisinga obusa, Katonda bw'ataka mu kutaka kwe, imwe okubonyaabonyezebwa nga mukola obusa okusinga nga mukola obubbiibi.18Kubanga era ne Kristo yabonyaabonyezeibwe olw'ebibbiibi omulundi gumu, omutuukirivu olw'abatali batuukirivu, atuleete eri Katonda; bwe yaitiibwe omubiri, naye n'azuukizibwa omwoyo; 19era gwe yayabiremu n'abuulira emyoyo egiri mu ikomera (mabbuusu), 20eira abatagondanga okugumiikiriza kwa Katonda bwe kwabbaire nga kulindirira mu naku gya Nuuwa, eryato bwe lyabbaire nga likaali lisibibwa, emaizi mwe gaalokoleire abantu ti bangi, niigyo myoyo omunaana:21era atyanu niigo agabalokoire imwe mu kifaananyi eky'amazima, niikwo okubatizibwa, ti kutoolawo mpitambibbi gyo mubiri, wabula okwiramu okw'omwoyo omusa eri Katonda, olw'okuzuukira kwa Yesu Kristo, 22ali ku mukono omuliiro ogwa Katonda, bwe yamalire okwaba mu igulu; bamalayika n'abalina obuyinza n'abaamasaza bwe baateekeibwe wansi we.
1Kale kubanga Kristo yabonyaabonyezeibwe mubiri, mweena muvaalenga ebyokulwanisia niigwo mwoyo ogwo; kubanga abonyaabonyezebwa omubiri ng'amalire okuleka ebibbiibi; 2kaisi mumale ebiseera byanyu ebisigaireyo nga mukaali muli mu mubiri, ti lwo kwegomba kwa bantu, naye olw'ebyo Katonda by'ataka.3Kubanga ebiseera ebyabitire byasoboire okutumala okukolanga ab'amawanga bye bataka, n'okutambuliranga mu bwenzi, okwegomba, okwekamiriria omwenge, ebinyumu, obutamiivu, n'okusinza ebifaananyi okw'omuzizo: 4ebyo niibyo bibeewuunyisia kubanga temwirukira wamu nabo mu bukaba obutabonebwanga butyo, nga babavuma: 5abaliwozia ensonga eri oyo eyeeteekereteekere okusala omusango gw'abalamu n'abafu. 6Kubanga enjiri kyeyaviire ebuulirwa era n'abafu, kaisi basalirwe omusango ng'abantu bwe bali mu mubiri, naye babbe abalamu nga Katonda bw'ali mu mwoyo.7Naye enkomerero ye byonabyona eri kumpi: kale mwegenderezenga mutamiirukukenga olw'okusaba: 8okusinga byonabyona nga mulina okutakagananga okungi einu mwenka na mwenka: kubanga okutaka kubiika ku bibbiibi bingi: 9nga musemberyagananga awabula kwemulugunya:10nga buli muntu bwe yaweweibwe ekirabo, nga mukiweerezia mwenka na mwenka mutyo, ng'abawanika abasa ab'ekisa kya Katonda ekitali kimu; 11omuntu yenayena bw'atumulanga, atumulenga ng'ebiragiro bya Katonda bwe biri; omuntu yenayena bw'aweerezanga, aweerezenga ng'amaani Katonda g'amuwa bwe gali: mu byonabyona Katonda agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, alina ekitiibwa n'obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.12Abatakibwa, temwewuunyanga olw'okwokyebwa okuli mu imwe, okwiza gye muli olw'okubakema, ng'ababoine eky'ekitalo: 13naye, kubanga mwikirirya kimu mu bibonoobono bya Kristo, musanyukenga; era ne mu kubikuliwa kw'ekitiibwa kye kaisi musanyuke n'okujaguza. 14Bwe muvumibwanga olw'eriina lya Kristo, mulina omukisa; kubanga Omwoyo ogw'ekitiibwa era ogwa Katonda atyama kwi imwe.15Kubanga omuntu yenayena ku imwe tabonyaabonyezebwanga ngo mwiti, oba mwibbi, oba mukozi wo bubbiibi, oba akeeta ebya bainaye: 16naye omuntu yenayena bw'abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga ensoni; naye atenderezenga Katonda mu liina eryo.17Kubanga obwire butuukire omusango gutandikire mu nyumba ya Katonda: kale, oba nga gusookeire gye tuli, enkomerero guliba gutya eri abo abatagondera njiri ya Katonda? 18Era oba nga kizibu omutuukirivu okulokoka, atatya Katonda omwonooni aliboneka waina? 19Kale n'abo ababonyaabonyezebwa nga Katonda bw'eyabatakire bamugisisyenga Omutonzi omwesigwa, obulamu bwabwe olw'okukola obusa.
1Kale mbuulirira abakaire abali mu imwe nze mukaire munaanyu era omutegeeza w'ebibonoobono bya Kristo, era agabanira awamu ekitiibwa ekyaaba okubikuliwa: 2mulisyenga ekisibo kya Katonda ekiri mu imwe, nga mukirabirira ti lwa maani naye lwo kutaka, nga Katonda bw'ataka so ti lwo kwegombanga amagoba mu bukuusa, naye lwo mwoyo; 3so ti ng'abeefuula abaami b'ebyo bye mwagisisibwe, naye nga mubbanga byokuboneraku eri ekisibo: 4Era Omuliisya omukulu bw'alibonesebwa, muliweebwa engule ey'ekitiibwa etewotoka.5Mutyo, abavubuka, mugonderenga abakaire. Era mweena mwesibenga obuwombeefu, okuweerezagananga mwenka na mwenka: kubanga Katonda aziyizia ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa. 6Kale mwewombeekenga wansi w'omukono ogw'amaani ogwa Katonda, kaisi abagulumizie ng'obwire butukire; 7nga mumusindiikiriryanga iye okweraliikirira kwanyu kwonakwona, kubanga iye ateeka ku mwoyo ebigambo byanyu.8Mutamiirukukenga, mumogenga; omulabe wanyu Setaani atambulatambula, ng'empologoma ewuluguma, ng'esagira gw'eyalya. 9oyo mumuziyizienga nga muli banywevu mu kwikirirya kwanyu, nga mumaite ng'ebibonoobono ebyo bituukirira eri bagande banyu abali mu nsi.10okubonyaabonyezebwaku akaseera akatono (kadiidiri), iye mwene alibatuukirirya, alibanywezia, alibawa amaani. 11Oyo aweebwenga obuyinza emirembe n'emirembe. Amiina.12Mbaweereirye ebbaluwa mu mikono gya Sirwano ow'oluganda omwesigwa, nga bwe ndowooza, ey'ebigambo ebitono (ebididiiri), nga mbabuulirira, ne mbategeezia ng'ekyo niikyo ekisa eky'amazima ekya Katonda; mukigumirengamu. 13Omukyala ali mu Babbulooni mulonde munanyu abasugiirye; ne Mako mwana wange. 14Musugiryagane n'okunywegera okw'okutaka. Emirembe gibbenga naimwe mwenamwena abali mu Kristo.
1Simooni Peetero, omwidu era omutume wa Yesu Kristo, eri abo abaafunire okwikirirya okw'omuwendo omungi nga ife bwe twafunire mu butuukirivu bwa Katonda waisu era Omulokozi waisu Yesu Kristo; 2ekisa n'emirembe byeyongerenga gye muli mu kutegeerera kimu Katonda ne Yesu Mukama waisu;3kubanga obuyinza bw'obwakatonda niibwo bwatuwaire byonabyona eby'obulamu n'eby'okutya Katonda, olw'okutegeerera kimu oyo eyatwetere olw'ekitiibwa n'obusa bwe iye; 4ebyatuweserye ebisuubizibwa eby'omuwendo omungi ebinene einu; olw'ebyo kaisi mugabanire wamu obuzaaliranwa bwa Katonda, bwe mwawonere okuva mu kuzikirira okuli mu nsi olw'okwegomba.5Naye era olw'ekyo kyeene bwe muleeta ku lwanyu okufuba kwonakwona, ku kwikirirya kwanyu mwongeryengaku obusa, era ne ku busa bwanyu okutegeera; 6era no ku kutegeera kwanyu okwegendereza; era n ku kwegendereza kwanyu okugumiikiriza; era no ku kugumiikiriza kwanyu okutya Katonda; 7era no ku kutya Katonda kwanyu okutaka ab'oluganda; era no ku kutaka ab'oluganda kwanyu okutaka.8Kubanga bwe mubba n'ebyo ne bibba ebingi, bibafuula abatali bagayaavu n'abandi ebibala olw'okutegeerera kimu Mukama waisu Yesu Kristo. 9Kubanga atabba n'ebyo iye muzibe (muduka) w'amaiso awunawuna, bwe yeerabira okunaabibwaku ebibbiibi bye eby'eira.10Kale, ab'oluganda, kyemwavanga mweyongera obweyongeri okufubanga okunywezia okwetebwa kwanyu n'okulondebwa: kubanga ebyo bwe mwabikolanga, temulyesitala n'akatono (akadidiiri): 11kubanga kityo tewalibulawo bugaiga mu kuyingira kwanyu mu bwakabaka obutawaawo obwa Mukama waisu era Omulokozi waisu Yesu Kristo.12Kyenaavanga nintaka enaku gyonagyona okubaijukirya ebyo waire nga mubimaite ne munywerera mu mazima ge mulina. 13Era ndowooza nga kye nsonga, nga nkaali mu kigangu kino, okubakubbirizyanga nga mbaijukirya; 14nga maite nga ndikumpi , okwambula amangu ekigangu kyange, era nga Mukama waisu Yesu Kristo bwe yategeezerye. 15Naye era nafubanga okubasobozesya buli kaseera nga malire okufa okwijukiranga ebyo.16Kubanga tetwasengereirye ngero egyagunjiibwe n'amagezi bwe twabategeezerye obuyinza n'okwiza kwa Mukama waisu Yesu Kristo, naye twaboine n'amaiso gaisu obukulu bwe. 17Kubanga yaweweibwe Katonda Itwaisu eitendo n'ekitiibwa, eidoboozi bwe lyaviire mu kitiibwa ekimasamasa ne liiza gy'ali liti nti Ono niiye Mwana wange omutakibwa, gwe nsanyukira einu: 18n'eidoboozi eryo ife ne tuliwulira nga liva mu igulu, bwe twabbaire awamu naye ku lusozi olutukuvu.19Era ekisinga obunywevu tulina ekigambo kya bannabbi; mukola kusa okukibona ekyo, ng'etaala eyakira mu kifo eky'endikirirya, okutuusa obwire bwe bulikya emunyeenye ekyesia obwire n'eyaka mu myoyo gyaisu: 20nga mumalire okutegeera kino, nti buli kigambo ekya banabbi ekyawandikiibwe tekitegeeza kukoma kw'oyo yenka. 21Kubanga wabula kigambo kya banabbi ekyabbaire kireeteibwe mu kutaka kw'abantu: naye abantu batumulanga ebyaviire eri Katonda, nga bakwatiibwe Omwoyo Omutukuvu.
1Naye era ne wabbaawo na bannabbi b'obubbeyi mu igwanga, era nga ne mu imwe bwe walibba begeresya b'obubbeyi, abegeresya mu nkiso obukyamu obuzikirirya, era nga beegaana no Mukama waabwe eyabagulire, nga beereetera okuzikirira okwangu. 2Era bangi abalisengererya obukaba bwabwe; abalivumisya engira ey'amazima. 3Era olw'okwegomba balibaviisyamu amagoba n'ebigambo ebyagunjiibwe: omusango gw'abo okuva eira tegulwa, n'okuzikirira kwabwe tekuwongera.4Kuba oba nga Katonda teyasonyiwire bamalayika bwe baayonoonere, naye n'abasuula mu lukonko n'abawaayo eri obwiina obwendikirirya, okubakuumira omusango; 5era n'atasonyiwa ensi ey'eira, naye n'awonya Nuuwa, omubuulizi w'obutuukirivu, na bainaye omusanvu bonka, bwe yaleetere amataba ku nsi ey'abatatya Katonda: 6era bwe yasirikirye ebibuga Sodoma ne Gomola n'abisalira omusango ng'abizikirizia ng'abifuula ekyokuboneraku eri abo abatalitya Katonda;7era n'alokola Luti omutuukirivu, bwe yabbaire nga yeeraliikirira inu olw'empisa egy'obukaba egy'ababbiibi 8(kubanga omuntu oyo omutuukirivu, bwe yatuulangire mu ibo, olw'okubona n'olw'okuwulira yanyolwanga mu mwoyo gwe omutuukirivu bulijo bulijo olw'ebikolwa byabwe eby'obujeemu): 9Mukama waisu amaite okulokola abatya Katonda mu kukemebwa, n'okukuuma abatali batuukirivu nga babonerezebwa okutuusia ku lunaku olw'omusango;10naye okusinga bonabona abatambula okusengererya omubiri mu kwegomba okw'obugwagwa ne banyooma okufugibwa. Abatatya, abakakanyali, tebakankana kuvuma be kitiibwa: 11naye bamalayika, waire nga niibo basinga amaani n'obuyinza, tebabaleetereku musango gwo buvumi eri Mukama waisu.12Naye abo, ng'ensolo egibula magezi egizaalibwa ensolo obusolo egy'okukwatibwanga n'okuzikirizibwanga, abavuma mu bigambo bye batategeera, mu kuzikirira kwabwe tebalireka kuzikirizibwa, 13nga boonoonebwa, niiye mpeera ey'okwonoona; abalowooza ebinyumu by'emisana nga isanyu, mabala n'obwonoonefu, abatiguka mu mbaga gy'abwe egy'okutakagana nga balya embaga awamu naimwe: 14nga balina amaiso agaizwire obwenzi, agataleka kwonoona; nga basendasenda emyoyo egitali minywevu; nga balina omwoyo ogwamanyiirire okwegomba; abaana ab'okukolimirwa;15abaleka engira engolokofu ne bakyama, nga basengererya engira ya Balamu omwana wa Beyoli, eyatakire empeera ey'obutali butuukirivu; 16naye n'anenyezebwa olw'obujeemu bwe iye: endogoyi etetumula bwe yatumwire n'eidoboozi ly'omuntu yaziyizire eiralu lya naabbi.17Abo niigyo ensulo egibulamu maizi, era niilwo lufu olutwalibwa n'embuyaga, abakuumirwa endikirirya ekwaite zigizigi. 18Kubanga, bwe bwebatumula ebigambo ebikulu einu ebibulamu, basendasenda mu kwegomba kw'omubiri, mu bukaba, abo abali okumpi n'okubairuka abatambulira mu bukyamu; 19nga babasuubizia okuweebwa eidembe, nga ibo beene baidu bo kuzikirira; kubanga omuntu bw'awangulibwa mwene, era abba mwidu we.20Kuba oba nga bwe bamalire okwiruka okuva mu bugwagwa bw'ensi mu kutegeerera dala Mukama waisu era Omulokozi Yesu Kristo, naye ne beegombesia mu obwo omulundi ogw'okubiri ne bawangulibwa eby'oluvaanyuma byabwe bisinga obubbiibi eby'oluberyeberye. 21Kubanga kyandibbaire kisa gye bali singa tebaategeire ngira y'obutuukirivu, okusinga, bwe bamalire okugitegeera, okwira enyuma okuleka ekiragiro ekitukuvu kye baaweweibwe. 22Kyabatuukirire ng'olugero olw'amazima bwe luli, nti Embwa eirire ebisesemye byayo, n'embiizi enaabibwa eirira okwekulukunya mu bitoosi.
1Abatakibwa, atyanu eno niiyo ebbaluwa ey'okubiri gye mbawandiikira; mu egyo gyombiri mbakubbirirya amagezi ganyu agabulamu bukuusa nga mbaijukirya; 2okwijukiranga ebigambo ebyatumwirwe eira banabbi abatukuvu, n'ekiragiro ky'abatume baanyu ekya Mukama waisu era Omulokozi:3nga mumalire okusooka okutegeera kino, nga mu naku egy'oluvannyuma abasekereri baliiza n'okusekerera, nga batambula okusengereryanga okwegomba kwabwe ibo 4ne batumula nti Okusuubiza kw'okwiza kwe kuli waina? Kubanga, bazeiza baisu kasookeire bagona, byonabyona bibba bityo bityo nga bwe byabbanga okuva ku kutondebwa.5Kubanga beerabira kino nga babona, ng'eira wabbairewo eigulu, n'ensi eyaviire mu maizi era yabbaire wakati mu maizi, olw'ekigambo kya Katonda, 6ensi ey'eira amaizi kyeyaviire gagisaanyaawo n'ezikirira: 7naye eigulu erya atyanu n'ensi olw'ekigambo ekyo bigisiibwe musyo, nga bikuumibwa okutuusia ku lunaku olw'omusango n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda.8Naye kino kimu temukyerabiranga, abatakibwa, nga eri Mukama waisu olunaku olumu luli ng'emyaka olukumi, n'emyaka olukumi giri ng'olunaku olumu. 9Mukama waisu talwisia kye yasuubizirye, ng'abandi bwe balowooza okulwa; naye agumiikirizia gye muli, nga tataka muntu yenayena kugota, naye bonabona batuuke okwenenya.10Naye olunaku lwa Mukama waisu lwiza nga mubbiibi; eigulu lwe lirivaawo n'okuwuuma okunene n'ebintu eby'obuwangwa birisaanuuka olw'okwokyebwa okungi, n'ensi n'ebikolwa ebigirimu birisirika.11Ebyo byonabyona bwe byaba okusaanuuka bityo, mugwaniire okubbanga mutya mu mpisa entukuvu n'okutyanga Katonda, 12nga musuubira nga mwegomba inu olunaku lwa Katonda okutuuka, olulisaanuusisia eigulu nga lyokyebwa, n'ebintu eby'obuwangwa ne biseebengerera olw'eibbugumu eringi? 13Naye nga bwe yasuubizire tusuubira eigulu eiyaka n'ensi enjaka, obutuukirivu mwe butyama.14Kale, abatakibwa, kubanga musuubira ebyo, mufubenga okusangibwa mu mirembe nga mubula ibala waire omusango mu maiso ge. 15Era mulowoozenga ng'okuguminkiriza kwa Mukama waisu niibwo bulokozi, era nga mugande waisu omutakibwa Pawulo mu magezi ge yaweweibwe bwe yabawandikiire; 16era nga mu bbaluwa gye gyonagyona, ng'atumula ku ebyo mu igyo; omuli ebimu ebizibu okutegeera, abatamaite n'abatali banywevu bye banioola, era nga n'ebyawandiikibwa ebindi, olw'okuzikirira kwabwe ibo.17Kale, abatakibwa, kubanga musookere okutegeera, mwekuumanga muleke okugwa okuva mu bunywevu bwanyu imwe nga mutwalibwa obukyamu bw'ababbiibi. 18Naye mukulire mu kisa ne mu kutegeera Mukama waisu era Omulokozi Yesu Kristo. Oyo awebwenga ekitiibwa atyanu era n'okutuusia ku lunaku olw'emirembe n'emirembe. Amiina.
1Ekyo ekyaliwo muntandiikwa- kyetwawulire netukyibona namaiso gaisu, Ekyo ekyetwaweineku netukikwataku niikyo ekigambo ekyobulamu ekitawaawo. 2Era obulamu bwaletebwere okumanyisibwa era twakiweineku era iffe tuli bajjulirwa kwekyo. ekyetulangirira egyemuli obulamu butuweibwa obwaluberera, owabaire ne Itawaiffe , era nibimanyirwa ejetuli.3kye twaboine ne tuwulira, niikyo kye tubabuulira mwena, mwena kaisi mwikirirye ekimu naife; era naye okwikirirya ekimu kwaisu kuli ne Itawaisu era n'Omwana we Yesu Kristo; 4n'ebyo tubiwandiika ife, eisanyu lyaisu kaisi lituukirire.5Gano nigo amawulire egatwawulire okuva jaali era tubategeza: Katonda kitangala, era mwiye wawula ndikiria. 6Otukobanga nti tukugana naaye nga tutambulira omudikiria,tubeya ate tutuli okozesa amazima 7.Naye otwatambuliranga omukitangala, ali mukitangala,tulina okukungananga na banaiswe,era omusai gwa yesu omwana we kututukula okuva mukibiibi.8Otukobanga nti tuwula ekibiibi ,twerimba,ate amazima tugawula. 9Naye otwenenya ebibiibi bwaiswe, mwesigwa ate mwekanya okutusonyiwa ebibiibi bwaiswe natutukuzza omuwutali butukuvu. 10Otukoba nti tutwonona,tumufula wawulimba,nte ekyigambo kye tukyibula.
31Bana bange abatobato enbawandikira ebintu bino muleke okugwa omukiibi. Era singa omuntu agwa omukiibibi, tulina atuwoleraza aba wanu nitawaife, yesu christo omutukirivu. 2Era niye atangi ebbiibi ,tibiibib byaiffe byonka, naye nebiibibi ebyensi yonayona. Tumaite nti tumumaite ,natakuma amateka ge.4Akoba nti amaite katonda nga takuma amateka gge mulimba era amazima tigali mwiye. 5Naye akwata ekigambo kye,era omumazima okutaka kwakatonda kutukirira mwiye.kino mwetutegerera nga tulimwiye. 6Oyo akoba nti ali mwiye kimugwanira iye yena okutambula nga iye buyatabwire.7Bakagwa mbawadikira eiteka eriyaka,omudagano eenkaire egyemwawulire okuva mutadikwa.edagana enkaire niyo ekigambo ekyemwabulire . 8Ate nga mbawandikira kigambo ekyaka, ekituffu omukristo mwimwe. kubanga endiikiria erivawo ate ekitagala ekituffu kyaaka.9Akoba nti alimukitagala nga akyawa omuganda we alimudikiria nokutusa atyanu. 10Ataka omugada we aba mukitangala, era wawula ekimusitaza. 11Naye akyaawa omugandawe ali mu ndikiiria,era tamaite ejjayaba kubanga endikiria emubiikaku amaiso.12Mbawadikira imwe, abaana, olwakuba ebiibi byamwe bisonyiwire olwalina lye. 13Mbawadikira ,abaazaire,kuba nga mumaite ebairewo omukutadiika.Mbawaandikira imwe abaisuka kubanga mwawagwire omubiibi. Mbawandikira imwe abaana , olwakuba mutegeire oitewaiffe. 14Nbawandikire imwe, ,abazaire, kubanga mumaite eyabaireyo omutandikwa.Mbawandikira imwe abaisuka, kubanga mulibagumu,era ekyigambo kyakatonda kyibasigalamu era muwagwire omulabe.15Temwatakanga ebyensii newakuwade ebiri munsi.Omuntu owatakanga ensi,okutaka kwamukama tukuba naye. 16Bui ekiri muunsi-okwaka kwamubiiri,okwaka kwamaiso,nokwegulumiza okwobulamu tibiva jokatonda naye munsii. 17Ensi ne bwetago bwaku bibwawo.Naye akola kaatonda akyataka abawo nemirembe gyonnagyonna.18Baana batobbato,kino nikyo ekyekomerero.nga omwawulire nti omulabe wa kristo alikwiza, atyanno abalabe be kristo bangi abbazire.olwakyino kilanga nti nikyo wkisera ekisembayo. 19Batuvirem,naye babaire munife.Singa babaire baife, awatali kuwusabusa, bakasigaire naife,naye batuvirem balyoke baboneke nti tibabaire baife.20Mwenamwena mufukibwaku amafuta eri Omutuknvu, era mumaite byonabyona. 21Timbawandiikire kubanga temumaite mazima, naye kubanga mugamaite, era kubanga wabula bubbeyi obuva mu mazima.22Omubbeyi niiye ani wabula oyo agaana nga Yesu ti niiye Kristo? Oyo niiye omulabe wa Kristo, agaana Itawaisu n'Omwana. 23Buli muntu yenayena agaana Omwana, ne Itawaisu nga tali naye; ayatula Omwana, ne Itwaisu ali naye.24Imwe kye mwawuliire okuva ku luberyeberye kibbenga mu imwe. Kye mwawulira okuva ku luberyeberye bwekyabbanga mu imwe, mwena mwabbannga mu Mwana ne mu Itawaisu. 25Na kuno niikwo kusuubiza kwe yatusuubizirye, obulamu obutawaawo. 26Ebyo mbawandiikire olw'ebigambo by'abo abakyamya.27Mwena okufukibwaku amafuta kwe mwaweweibwe iye kubba mu imwe, so temwetaaga muntu yenayena okubayigirizanga; naye ng'okufuka kwe okw'amafuta bwe kubayigiriza mu bigambo byonabyona, era kwa mazima so ti bubbeyi, era nga bwe kwabayigirizirie, mubbenga mu iye. 28Ne atyanu, abaana abatobato, mubbenga mu iye; bw'alibonesebwa kaisi tubbe n'obugumu, era ensoni gireke okutukwatira mu maiso ge mu kwiza kwe. 29Oba nga mumaite nga mutuukirivu, era mutegeera nga buli muntu yenna akola obutuukirivu yazaaliibwe iye.
1Mubone okutaka bwe kuli okunene Itawaisu kwe yatuwaire, ife okwetebwanga abaana ba Katonda; era bwe tuli. Ensi kyeva ereka okututegeera, kubanga teyamutegeire iye. 2Abatakibwa, atyanu tuli baana ba Katonda, so kikaali kubonesebwa kye tulibba. Tumaite nti bw'alibonebonesebwa tulifaanana nga iye; kubanga tulimubona nga bw'ali. 3Era buli muntu yenayena alina eisuubi eryo mu iye yetukuzia ng'oyo bw'ali omutukuvu.4Buli muntu yenayena akola ekibbiibi, akola n'obujeemu; era ekibbiibi niibwo bujeemu. 5Era mumaite ng'oyo yaboneseibwe era atwoirewo ebibbiibi; ne mu iye mubula kibbiibi. 6Buli muntu yenayena abba mu iye takola kibbiibi: buli muntu yenayena akola ekibbiibi nga tamubonangaku, so tamutegeera.7Abaana abatobato, omuntu yenayena tabakyamyanga; akola obutuukirivu iye mutuukirivu, nga iye bw'ali omutuukirivu; 8akola ekibbiibi wa Setaani; kubanga okuva ku luberyeberye Setaani akola bibbiibi. Omwana wa Katonda kyeyaviire abonesebwa amalewo ebikolwa bya Setaani.9Buli muntu yenayena eyazaaliibwe Katonda takola kibbiibi, kubanga ensigo ye ebba mu niiye; so tayinza kukola kibbiibi, kubanga yazaaliibwe Katonda. 10Ku kino abaana ba Katonda n'abaana ba Setaani kwe babonekera: buli muntu yenayena atakola butuukirivu ti wa Katonda, waire atataka omugande.11Kubanga kino niikyo kigambo kye mwawuliire okuva ku luberyeberye ife okutakagananga 12ti nga Kayini bwe yabbaire ow'omubbiibi n'aita mugande. Era yamwitiire ki? kubanga ebikolwa bye byabbaire bibbiibi n'ebya mugande bituukirivu.13Temwewuunyanga, ab'oluganda, ensi bw'ebakyawanga. 14Ife tumaite nga twava mu kufa ne tuyingira mu bulamu, kubanga tutaka ab'oluganda. Atataka abba mu kufa. 15Buli muntu yenayena akyawa mugande iye mwiti; era mumaite nga wabula mwiti alina obulamu obutawaawo nga bubba mu iye.16Ku kino kwe tutegeerera okutaka, kubanga oyo yawaireyo obulamu bwe ku lwaisu: feena kitugwanira okuwangayo obulamu bwaisu ku lw'ab'oluganda. 17Naye buli alina ebintu eby'omu nsi, nalingirira mugande nga yeetaaga, namwigalirawo emeeme ye, okutaka kwa Katonda kubba kutya mu iye? 18Abaana abatobato, tuleke okutakagananga mu kigambo ne mu lulimi, naye mu kikolwa ne mu mazima.19Ku kino kwe twategeereranga nga tuli ba mazima ne tukaikania omwoyo gwaisu mu maiso ge, 20mu buli kigambo omwoyo gwaisu kye gutusalira okutusinga; kubanga Katonda asinga obukulu omwoyo gwaisu, era ategeera byonabyona. 21Abatakibwa, omwoyo bwe gutatusalira kutusinga, tubba n'obugumu eri Katonda; 22era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maiso ge.23Ne kino niikyo kiragiro kye, twikirirye eriina ly'Omwana we Yesu Kristo, era tutakaganenga, nga bwe yatuwaire ekiragiro. 24Era akwata ebiragiro bye abba mu iye, naye mu iye. Era ku kino kwe tutegeerera ng'abba mu ife, olw'Omwoyo gwe yatuwaire.
1Abatakiwa, temwikiririanga buli mwoyo, naye mukemenga emyoyo, oba nga gyaviire eri Katonda: kubanga banabi ab'obubbeyi bangi abafuluma mu nsi. 2Mutegeererenga ku kino Omwoyo gwa Katonda: buli mwoyo ogwatula nga Yesu Kristo yaizire mu mubiri nga guviire eri Katonda: 3na buli mwoyo ogutayatula Yesu nga teguviire eri Katonda: era ogwo niigwo mwoyo gw'omulabe wa Kristo, gwe mwawulire nga gwiza, era atyanu gumalire okubba mu nsi.4Imwe muli ba Katonda, abaana abatobato, era mwawangwire kubanga ali mu imwe asinga obukulu ali mu nsi. 5Abo be nsi: kyebava batumula eby'ensi, ensi n'ebawulira. 6Ife tuli ba Katonda: ategeera Katonda atuwulira ife; atali wa Katonda tatuwulira. Ku ekyo kwe tutegeerera omwoyo ogw’amazima n'omwoyo ogw'Obukyamu.7Abatakibwa, tutakaganenga: kubanga okutaka kuva eri Katonda; na buli muntu yenayena ataka yazaaliibwe Katonda era ategeera Katonda. 8Atataka tategeera Katonda; kubanga Katonda kutaka.9Ku kino okutaka kwa Katonda kwe kwekubonekebwa gye tuli, kubanga Katonda yatumire mu nsi Omwana we eyazaaliibwe omumu kaisi tubbe abalamu ku bw'oyo. 10Mu kino niimwo muli okutaka, so ti nga ife twatakire Katonda, naye nga iye yatutakire ife, n'atuma Omwana we okubba omutango olw'ebibbiibi byaisu.11Abatakibwa, nga Katonda bwe yatutakire atyo, feena kitugwanira okutakagananga. 12Wabula eyabbaire aboine ku Katonda wonawona: bwe tutakagana, Katonda abba mu ife, n'okutaka kwe nga kutuukiriire mu ife: 13ku kino kwe tutegeerera nga tubba mu iye, yeena mu ife, kubanga yatuwaire ku Mwoyo gwe. 14feena twaboine era tutegeeza nga Itawaisu yatumire Omwana we okubba Omulokozi w'ensi.15Buli ayatula nga Yesu niiye Mwana wa Katonda, Katonda abba mu iye, yeena mu Katonda. 16Ate twategeire era twaikirirye okutaka Katonda kw'alina gye tuli. Katonda kutaka; n'oyo abba mu kutaka abba mu Katonda, ne Katonda abba mu iye.17Mu ekyo okutaka mwe kutuukirizibwa gye tuli, tubbe n'obugumu ku lunaku olw'omusango; kuba iye nga bw'ali, feena bwe tuli mu nsi muno. 18Mubula kutya mu kutaka, naye okutaka okutuukirivu kusengererya ewanza okutya, kubanga okutya kulimu okubonerezebwa; n'oyo atya akaali kutuukirizibwa mu kutaka.19Ife tutaka, kubanga iye yasookere okututaka ife. 20Omuntu bw'atumula nti Ntaka Katonda, n'akyawa mugande, mubbeeyi; kubanga atataka mugande gwe yabbaire aboineku, Katonda gw'atabonangaku tasobola kumutaka. 21Era tulina ekiragiro kino ekyaviire gy'ali, ataka Katonda atakenga ne mugande.
1Buli muntu yenayena aikirirya nga Yesu niiye Kristo, ng'azaalibwe Katonda: na buli ataka eyazaire ataka n'oyo gwe yazaire. 2Ku ekyo kwe tutegeerera nga tutaka abaana ba Katonda, bwe tutaka Katonda ne tukola ebiragiro bye. 3Kubanga kuno niikwo kutaka kwa Katonda ife okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.4Kubanga buli ekyazaaliibwe Katonda kiwangula ensi; era kuno niikwo kuwangula okwawangwire ensi, okwikirirya Itawaisu. 5Era awangula ensi niiye ani, wabula aikirirya nga Yesu niiye Mwana wa Katonda?6Oyo niiye yaizire n'amaizi n'omusaayi, Yesu Kristo; ti na maizi gadi gonka, naye n'amaizi gadi n'omusaayi gudi. 7Era Omwoyo yategeezerye, kubanga Omwoyo niigwo mazima. 8Kubanga abategeeza basatu, Omwoyo n'amaizi n'omusaayi; era abasatu abo baabira wamu.9Bwe twikirirya okutegeeza kw'abantu, okutegeeza kwa Katonda niikwo kusinga obukulu: kubanga okutegeeza kwa Katonda niikwo kuno nti ategeezerye eby'Omwana we. 10Aikirirya Omwana wa Katonda alina okutegeeza mu iye; ataikirirya Katonda ng'amufiire mubbeeyi; kubanga taikirirya kutegeeza Katonda kw'ategeezerya eby'Omwana we.11Era okutegeeza niikwo kuno nti Katonda yatuwaire obulamu obutawaawo, era obulamu obwo buli mu Mwana we. 12Alina Omwana alina obulamu; abula Mwana wa Katonda abula bulamu.13Ebyo mbiwandiikiire imwe, mumanye nga mulina obulamu obutawaawo, imwe abaikirirya eriina ly'Omwana wa Katonda. 14Era buno niibwo bugumu bwe tulina eri ye, nti bwe tusaba ekintu nga bw'ataka, atuwulira: 15era bwe tumanya ng'atuwulira buli kye tusaba, tumaite nga tulina ebyo bye tumusabire.16Omuntu yenayena bw'abonanga mugande ng'akola ekibbiibi ekitali kyo kufa, yasabanga, ne Katonda yamuwanga obulamu abo abakola ekibbiibi ekitali kyo kufa. Waliwo ekibbiibi eky'okufa: ekyo ti niikyo kye ntumulaku okukyegayiririranga 17Buli ekitali kya butuukirivu kibbiibi: era waliwo ekibbiibi ekitali kyo kufa.18Tumaite nga buli muntu yenayena eyazaaliibwe Katonda takola kibbiibi; naye eyazaaliibwe Katonda amukuuma, omubbiibi n'atamukwataku. 19Tumaite nga tuli ba Katonda, n'ensi yonayona eri mu bubbiibi.20Era tumaite nga Omwana wa Katonda yaizire n'atuwa amagezi n'okutegeera tutegeera ow'amazima, era tuli mu oyo ow'amazima, mu Mwana we Yesu Kristo. Oyo niiye Katonda ow'amazima, n'obulamu obutawaawo. 21Abaana abatobato, mwekuumenga ebifaananyi.
1Nze omukaire mpandikira omukali omulonde nabaana abentaka amazima, tininze zenka naye nabo abamaite amazima. 2Olwamazima agalimwiswe era agali kwaba okuba mwiswe emirembe ne mirembe. 3Ekisa okusasira n'emirembe egiva eri katonda itawaiswu ne yesu kristo omwana wa Itawaisu, bibbenga naiswe mu mazima n'okutaka.4Nsannyukire inno okusanga nga abaana baaimmwe batambuulira mu mazima nga weetwafunire ekiragiro okuva eri Itawaisu. 5Atyano nkwegayirira iwe omukaali tinga akuwandiikira ekiragiro ekiyaaka naye ekyetwabbaire nakyo okuva ku ntandiikwa, tutakaganenga ffenka ffenka. 6Kuno niiko okutaka nti tutambuulire okusinzira ku biragiro bye. Kino niikyo ekiragiro ekemwawuulire okuva ku ntandiikwa kyetulina okutambuulirangamu.7Kubanga ababbeeyi bangi ababire mu nsi ate nga tebayatula nti Yesu Kristo yaizire mu mubiri. Ono niiye omubbeeyi ate omulabe wa Kristo. 8Mwekuumenga muleme okufiirw emirimu gitwakolere, naye muweebwe empeera ezwiire.9Buli muntu abitirira natabba mu kusomesa kwa Yesu abba abula Katonda naye asigala mukusomesa kwe, abba alina itawaisu n'omwana. 10Omuntu yennayenna ewaiza gyemuli nataleeta okusomesa kuno tumumusugiryanga kubanga 11oyo amusugirya abba yenyigira mu bibbiibbi bye.12Ndina ebintu bingi ebyokubawandiikira naye tinatakire kubiwandiika ku lupapula ne bwino: naye nsuubira okwiiza gyemuli okwogera maiso ku maiso, essanyu lyaisu lituukirire. 13Abaana b'omugandawo omulonde bakulamusirye.
1Okuva eri omukaire Gaayo ogwentaka mu mazima. 2Mukwagwa nsaba nti byombyonna bikutambuulire kusa ate obbe mulamu ng'omwoyo gwo bweguli omulamu. 3Kubanga nasanyukire inno aboluganda weebaizire nebanteegeza amazima gwo nga iwe w'otambuulira mu mazima. 4Mbula isannyu eringi erisinga lino, okuwuulira abaana banga nga batambuulira mu mazima.5Mukagwa oli mwesigwa mubuli kintu ky'okolera abaganda bo waire bagwiira. 6Abawaire obujjulizi kukutaka ko mu maiso ge Kanisa. Abo iwabatambuzanga nga Katonda bwataka oiza kola kusa. 7Ku lwekyo ku lwe liina lya Katonda baibire mu maiso, nnibatatwala ekintu kyonnakyonna okuva eri abagwiira. 8Kale kitugwaniire okusembeeza abantu abalinga abo tulyoke tubbe bayambi abainaibwe mu mazima.9Nabawandikiire ekanisa: naye Diyotuleefe ataka okubba omukulu waabe tiyatwanniirizire. 10Owendiza njiza kujukirya abantu ebikolwa bye bakola nga atutumulaku ebigambo ebibbiibbi ebubulamu era nga yenna tasembeeza aboluganda era nabataka okubasembeza abagaana nababbinga mu Kanisa.11Omutakibwa, tosengereryanga kibbiibi, wabula ekisa. Akola obusa iye wa Katonda: akola obubbiibi nga tabonanga Katonda. 12Demeteriyo asiimibwa bonabona, era n'amazima geene: era feena tutegeeza; weena omaite ng'okutegeeza kwaisu kwa mazima.13Nabbaire ne ebigambo bingi okukuwandiikira, naye tintaka kukuwandiikira no bwino ne kalaamu: 14naye nsuubira okukubona amangu, tulitumula munwa ku munwa. 15Emirembe gibenga gy'oli. Ab'omikwano (abemikaagwa) bakusugiirye. Sugirya ab'omukwanu (ab'omukaagwa) ng'amaina gaabwe bwe gali.
1Yuda, omwidu wa Yesu Kristo, era mugande wa Yakobo, eri abo abayeteibwe, abatakibwa mu Katonda Itawaisu era abakuumirwa Yesu Kristo: 2okusaasira n'emirembe n'okutaka bitumulwengaku gye muli.3Abatakibwa, bwe nabbaire nga nfuba okubawandiikira eby'obulokozi bwaisu fenafena, nawalirizibwe okubawandiikira okubabuulirira okuwakaniranga einu okukwikirirya abatukuvu kwe baweweibwe omulundi ogumu. 4Kubanga waliwo abantu abayingirire nga basensera abawandiikirwe eira omusango guno, abatatya Katonda, abakyusia ekisa kya Katonda waisu okubba obukaba, ni beegaana Yesu Kristo, niye Mwami niye Mukama waisu omumu yenka.5Naye ntaka kubaijukirya, waire nga byonabyona mwabimanyire omulundi gumu, nga Mukama, bwe yamalire okulokola abantu mu nsi y'e Misiri, oluvannyuma n'azikiriria abataikirirya. 6N'abamalayika abatakuumire obukulu bwabwe ibo, naye ne baleka ekifo kyabwe ibo abeene, abakuumira mu njegere ej'enaku jonajona wansi w'endikirirya olw'omusango ogw'oku lunaku olukulu.7Nga Sodomu ne Gomola n'ebibuga ebyalirainewo, bwe byayendeire kimu okwekankana naibo ne bikyama okusengererianga omubiri ogundi byatekeibwewo okubba ekyokuboneraku, nga bibonerezebwa n'omusango ogw'omusio ogutawawo. 8Naye era bekankana n'abo mu kulootaloota kwabwe nga basiiga omubiri empitambibbi era bagaana obukulu, era bavuma ab'ekitiibwa.9Naye Mikaeri, malayika omukulu, bwe yatonganire ne Setaani n'atumula naye olw'omubiri gwa Musa, tiyasoboire kumuleetaku omusango gw'okuvuma, naye yakobere nti Mukama akunenye. 10Naye abo bye batamanyire byonabyona babivuma: bye bamanyire mu buzaaliranwa ng'ensolo egibula magezi mu ebyo bazikirira. 11Gibasangire! kubanga batambulira mu ngira ya Kayini, ne bapyatira mu kukyama kwa Balamu olw'empeera, ne babuulira mu kuwakana kwa Koola.12Bano niigo amabbaale agataboneka mu mbaga janyu ejokutagana bwe balya naimwe, abasumba abeerisia bonka awabula kutya; ebireri ebibulamu maizi nga bitwalibwa empewo; emisaale egiwaatula, egibula bibala, egyafiire awabiri, egyakuulibwe n'emmizi; 13amayengo ag'omu nyanza ageefuukuula, agabbimba eijovu nijo ensoni jabwe ibo; emunyenye egikyama ejigisiibwe endikirirya ekwaite einu emirembe n'emirembe.14Era abo yabalaguliireku Enoka ow'omusanvu okuva ku Adamu, ng'atumula nti bonabona, Mukama yaizire n'abatukuvu be mutwalo 15okuleeta omusango ku bonabona, n'okusinzia omusango bonabona abatatya Katonda olw'ebikolwa byabwe byonabyona bye bakoleire mu butatya Katonda, n'olw'ebigambo byabwe byonabyona ebikakanyavu aboonoonyi abatatya Katonda bye bamutumwireku. 16Abo niibo abeemulugunya, niibo abanyiiga, abatambula ng'okwegomba kwabwe bwe kuli (n'omunwa gwabwe gutumula ebigambo ebiyinga okukulumbala), nga bateekamu abantu ekitiibwa olw'amagoba.17Naye imwe, abatakibwa mwijukirenga ebigambo ebyatumuliibwe eira abatume ba Mukama waisu Yesu Kristo; 18bwe bakobere nti Mu biseera eby'oluvannyuma walibbaawo abasekereri abatambula ng'okwegomba kwabwe ibo bwe kuli okw'obutatya Katonda. 19Abo niibo baleeta okwawula, ab'omubiri, ababula Mwoyo.20Naye imwe, abatakibwa, bwe mwezimba ku kwikirirya kwanyu okutukuvu einu, nga musaba mu Mwoyo Omutukuvu, 21mwekuumenga mu kutaka kwa Katonda, nga mulindirira okusaasira kwa Mukama waisu Yesu Kristo olw'obulamu obutawaawo22Era abandi mubasaasirenga ababuusabuusa; 23era abandi mubalokolenga, nga mubakwakkula okubatoola mu musio; era abandi mubasaasirenga mu kutya; nga mukyawa ekivaalo omubiri kye gwasiigire amabala.24Naye oyo ayinza okubakuuma obuteesitala, n'okubemererya mu maiso g'ekitiibwa kye nga mubulaku obuleme mu kujaguzia, 25Katonda omumu yenka Omulokozi waisu, ku bwa Yesu Kristo Mukama waisu, aweebwenga ekitiibwa, obukulu, amaani n'obuyinza, eira n'eira ng'emirembe n'emirembe gikaali okubbaawo, atyanu era n'emirembe egitaliwaawo. Amiina.
1Okubikuliwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwaire okulaga abaidu be ebigwanira okubbaawo amangu: nabulirira mu malayika we ng'amutuma eri omwidu we Yokaana, 2eyategezerye ekigambo kya Katonda n'okutegeezia kwa Yesu Kristo, byonabyona bye yaboine. 3Alina omugisa oyo asoma, n'abo abawulira ebigambo by'obunabi buno, era n'abakwata ebiwandiikibwe mu ibwo: kubanga ekiseera kiri kumpi.4Yokaana eri ekanisa omusanvu ej'omu Asiya: ekisa kibbenga na imwe n'emirembe ebiva eri oyo abbaawo era eyabbairewo era aiza okubbaawo; era ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maiso g'entebe ye; 5era ebiva eri Yesu Kristo, omujulirwa omwesigwa, omuberyeberye w'abafu, era afuga bakabaka b'omu nsi. Atutaka, era eyatusumulwire mu bbiibi byaisu olw'omusaayi gwe; 6n'atufuula obwakabaka, bakabona eri Katonda Itaaye; ekitiibwa n'obuyinza bibbenga eri oyo emirembe n'emirembe. Amiina.7Bona, aiza n'ebireri era buli liiso lirimubona, n'abo abaamufumitire; n'ebika byonabyona eby'omu nsi birimukubbira ebiwoobe. Niwowaawo, Amiina. 8Nze ndi Alufa ne Omega, bw'atumula Mukama Katonda, abbaawo era eyabbaairewo era aiza okubbaawo, Omuyinza w'ebintu byonabyona.9Nze Yokaana mugande wanyu era aikirirya ekimu mu kubonaabona ne mu bwakabaka ne mu kugumiikirizia ebiri mu Yesu, nabbaire ku kizinga ekyetebwa Patumo, olw'ekigambo kya Katonda era n'olw'okutegeezia kwa Yesu. 10Nabbaire mu Mwoyo ku lunaku lwa Mukama ne mpulira ennyuma wange eiddoboozi einene, ng'ery'akagombe, 11nga katumula nti Ninze Alufa ne Omega, era Ky'obona, wandiika mu kitabo, okiweerezie ekkanisa omusanvu; eri Efeso, n'eri Sumuna, n'eri Perugamo, n'eri Suwatira, n'eri Saadi, n'eri Firaderufiya, n'eri Lawodikiya.12Ni nkyuka okubona eiddoboozi eryatumwire nanze. Bwe nakyukire, ne mbona etabaaza musanvu eja zaabu; 13ne wakati w'ettabaaza ne mbona afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'avaaire okutuuka ku bigere, era ng'asibiibwe mu kifubba olukoba olwa zaabu.14N'omutwe gwe n'enziiri je nga gitukula ng'ebyoya by'entaama ebitukula ng'omuzira; n'amaiso ge ng'ennimi j'omusio; 15n'ebigere bye nga bifaanana ng'ekikomo ekizigule, ng'ekirongooseibwemu musio; n'eiddoboozi lye nga liri ng'eiddoboozi ly'amaizi amangi. 16Era ng'akwaite mu mukono gwe omuliiro emunyeenye musanvu: ne mu munwa gwe ne muvaamu ekitala ekisala eky'obwogi obubiri: ne kyeni kye nga kiri ng'eisana bw'eryaka mu maani gaalyo.17Bwe namuboine, ne ngwa ku bigere bye ng'afire. N'anteekaku omukono gwe omuliiro, ng'atumula nti Totya; ninze w'oluberyeberye era ow'enkomerero, 18era Omulamu; era nabbaire nfire, era, bona, ndi mulamu emirembe n'emirembe, era ndina ebisulumuzo eby'okufa n'eby'Emagombe.19Kale wandiika by'oboine, n'ebiriwo, n'ebyaba okubbaawo oluvanyuma lw'ebyo; 20ekyama ky'emunyenye omusanvu j'oboine mu mukono gwange omuliiro n'etabaaza omusanvu eja zaabu. Emunyenye omusanvu niibo bamalayika b'ekkanisa omusanvu: n'etabaaza omusanvu niijo kanisa omusanvu.
1Eri malayika ow'ekanisa ey'omu Efeso wandiika nti Ati bw'atumula oyo akwata emunyeye omusanvu mu mukono gwe omuliiro atambulira wakati w'etabaaza omusanvu eja zaabu, nti 2Maite ebikolwa byo, n'okufuba kwo n'okugumiikirizia kwo, era nga toyinza kugumiikirizia ababbiibi, era wabakemere abeeyeta abatume so nga ti niibo, era wababoine nga babbeyi;3era olina okugumiikirizia, era wagumire olw'eriina lyange, so tiwakoowere 4Naye ndina ensonga ku iwe, kubanga walekere okutaka kwo okw'oluberyeberye. 5Kale ijukira gye wagwire, weenenye, okolenga ebikolwa eby'oluberyeberye; bw'otalikola mbw'otyo, ngiza gy'oli, era nditoolawo etabaaza yo mu kifo kyayo, bw'otalyenenya.6Naye kino ky'olinakyo kubanga okyawa ebikolwa by'Abanikolayiti, nzena bye nkyawa. 7Alina okitu awulire Omwoyo ky'akoba ekanisa. Awangula ndimuwa okulya ku musaale gw'obulamu, oguli wakati mu lusuku lwa Katonda.8Era eri malayika ow'ekanisa ey'omu Samuna wandiika nti Ati bw'atumula ow'oluberyeberye era ow'enkomerero, eyabbaire afire n'aba omulamu nti 9Maite okubonaabona kwo n'obwavu bwo (naye oli mugaiga), n'okuvoola kw'abo abeeyeta Abayudaaya so nga ti niibo, naye ikuŋaaniro lya Setaani.10Totya by'oyaba okubonaabona: bona, omulyolyomi oyo ayaba okusuula abandi mu imwe mu ikomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku ikumi. Obbenga mwesigwa okutuusia okufa, nzena ndikuwa engule ey'obulamu. 11Alina okitu awulire Omwoyo ky'akoba ekkanisa. Awangula talirumwa n'akatono okufa kwo kubiri.12Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Perugamo wandiika nti Ati bw'atumula oyo alina ekitala ekisala eky'obwogi obubiri, nti 13Maite gy'otyama awali entebe ey'obwakabaka eya Setaani: era okwata erina lyange so tiwegaine eriina lyange no kwikirirya kwange era ni mu naku ja Antipa, omujulirwa wange omusaiza wange omwesigwa, eyaitiibwe ewanyu, Setaani w'atyama.14Naye nnina ensonga ku iwe ti nyingi, kubanga olina eyo abakwata okwegesia kwa Balamu, eyayigirizia Balaki okuteeka enkonge mu maiso g'abaana ba Isiraeri, okulya ebyaweeibwe eri ebifaanyanyi n'okwenda. 15Era weena otyo olina abakwata okuyigirizia kw'Abanikolayiti.16Kale weenenye; naye bw'otalyenenya, ngiza gy'oli mangu, era ndirwana nabo n'ekitala eky'omu munwa gwange. 17Alina ekitu awulire Omwoyo ky'akoba ekanisa. Awangula ndimuwa ku maanu eyagisiibwe, era ndimuwa eibbaale eryeru, era ku ibbaale kuwandiikibweku erina eiyaaka: omuntu yenayena ly'atamaite wabula aweebwa.18Era eri malayika ow'ekanisa ey'omu Suwatira wandiika nti Ati bw'atumula Omwana wa Katonda, alina amaiso agali ng'enyota gy'omusio, n'ebigere bye ebifaanana ng'ekikomo ekizigule, nti 19Maite ebikolwa byo n'okutaka n'okwikirirya n'okuweerezia n'okugumiikirizia kwo, n'ebikolwa byo eby'oluvanyuma nga bingi okusinga eby'oluberyeberye.20Naye ndina ensonga ku iwe, kubanga oleka omukali odi Yezeberi, eyeeyeta nabi; n'ayegesia n'akyamya abaidu bange okwendanga, n'okulyanga ebyaweeweibwe eri ebifaanyanyi. 21Era namuwaire eibbanga okwenenya; n'atataka kwenenya mu bwenzi bwe.22Bona musuula ku kiriri, n'abo abenda naye mu kubonaabona okungi, bwe bateenenye mu bikolwa bye. 23Era n'abaana be ndibaita n'olumbe; ekkanisa gyonagyona ne gitegeera nga ninze oyo akebera emeeme n'emyoyo : era ndiwa buli muntu mu imwe ng'ebikolwa byanyu bwe biri.24Naye mu Imwe mbakoba, abasigairewo ab'omu Suwatira, bonabona ababula kuyigirizia kuno, abatamaite bya buliba bya Setaani, nga bwe batumula; timbateekaku Imwe mugugu ogundi 25Wabula kye mulina mukikwatenga, okutuusia lwe ndiiza.26Era awangula n'akwatanga ebikolwa byange okutuusia ku nkomerero, oyo ndimuwa amaani ku mawanga: 27era alibalisia n'omwigo gw'ekyoma, ng'ebibya ebibumbe bwe byatikayatika; era nzena nga bwe naweeibwe Itawange; 28era ndimuwa emunyenye ey'amakeeri. 29Alina okitu awulire Omwoyo ky'akoba ekanisa.
1Era eri malayika ow'ekanisa y’omu Saadi wandiika nti Ati bw'atumula oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda, n’emunyenye omusanvu, nti Maite ebikolwa byo, ng'olina eriina ery'okubba omulamu, era oli mufu. 2Moga, onywezie ebisigaireyo ebyabbaire byaaba okufa: kubanga tinaboine ku bikolwa byo ekyatuukirire mu maiso ga Katonda wange.3Kale ijukira bwe waaweeweibwe ne bwe wawuliire; okwate, weenenye. Kale bw'otalimoga, ngiza ng’omwibbi, so tolimanya saawa gye ndiiziramu gy'oli. 4Naye olina amaani matono mu Saadi agataayonoona ngoye gyabwe: era balitambula nanze mu ngoye njeru; kubanga basaanire.5Atyo awangula alivaalisibwa engoye enjeru; so tindisangula n'akatono eriina lye mu kitabo ky'obulamu, era ndyatula eriina lye mu maiso ga Itawange ne mu maiso ga bamalayika be. 6Alina ekitu awulire Omwoyo ky'akoba ekanisa.7Era eri malayika ow'ekanisa ey'omu Firaderufiya wandiika nti ati bw'atumula oyo omutukuvu ow'amazima, alina ekisulumuzo kya Dawudi, aigulawo, so wabula muntu aligalawo, aigalawo, so wabula muntu aigulawo, nti 8Maite ebikolwa byo (bona, nateekere mu maiso go olwigi olwigwirewo, omuntu yenayena lw'atasobola kwigalawo) ng'olina amaani matono n’okwata ekigambo kyange, so tiwegaine liina lyange.9Bona, ab'omu ikuŋaaniro lya Setaani abeeyeta Abayudaaya, so ti niibo, naye babbeyi; bona, ndibaleeta okusinza mu maiso g'ebigere byo era ndibamanyisia nga nakutakire. 10Kubanga weekuumire ekigambo eky'okugumiinkiriza kwange, era nzeena ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky'okukemebwa, ekyaba okwiza ku nsi gyonagyona, okukema abatyama ku nsi. 11Ngiza mangu: nywezia ky'olina, omuntu aleke okutwala engule yo.12Awangula ndimufuula empagi mu yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma ate wanza: nzeena ndiwandiika ku iye eriina lya Katonda wange n'eriina ly'ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiyaka, ekiika okuva mu igulu eri Katonda wange, n'eriina lyange eiyaka. 13Alina okitu awulire Omwoyo ky'akoba ekanisa.14Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Lawodikiya wandiika nti Ati bw'atumula oyo Amiina, omujulizi omwesigwa era ow'amazima, oluberyeberye lw'okutonda kwa Katonda, nti 15Maite ebikolwa byo, nga tonyogoga so tobuguma: waakiri obbe ng'onyogoga oba obuguma. 16Kityo kubanga olina ekibuguumirize, so tonyogoga so tobuguma, ndikusesema mu munwa gwange.17Kubanga otumula nti Ndi mugaiga, era ngaigawaire, so mbulaku kye neetaaga, so tomaite ng'oli munaku iwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w'amaiso era ali obwereere: 18nkuwa amagezi okugula gye ndi ezaabu eyalongooseibwe mu musyo, kaisi ogaigawale, n'engoye enjeru, kaisi ovaale, era ensoni egy'obwereere bwo gireke okuboneka; n'obulezi bw'okusiiga ku maiso go, kaisi obone.19Nze bonabona be ntaka mbanenya, era mbabuulirira: kale nyiikira weenenye. 20Bona, nyemereire ku lwigi, neeyanjula: omuntu yenayena bw'awulira eidoboozi lyange, n'aigulawo olwigi, naayingira gy'ali, era naaliira wamu naye, naye nanze.21Awangula ndimuwa okutyama awamu nanze ku ntebe yange ey'obwakabaka, era nga nzeena bwe nawangwire, ne ntyama wamu ne Itawange ku ntebe ye ey'obwakabaka. 22Alina ekitu awulire Omwoyo ky'akoba ekanisa.
1Oluvanyuma lw'ebyo ne nembona era, bona, olwigi olwigwirwewo mu igulu, n'eiddoboozi lye nnasookere okuwulira, ng'ery'akagombe, nga litumula nanze, ng'atumula nti niina okutuuka wano, nzena naakulaga ebigwanira okubbawo oluvannyuma lw'ebyo. 2Amangu ago Nabbaire mu Mwoyo: era, bona entebe ey'obwakabaka yabbaire ng'eteekeibwewo mu igulu, era nga waliwo eyabbaire atyaime ku ntebe; 3naye eyabbaire atyaime yabbaire afaanana nga eibbaale erya yasepi n'erya sadio okuboneka: era nga waliwo ne musoke okwetooloola entebe eyabbaire afaanana nga zumaliidi okuboneka.4Entebe ey'obwakabaka yabbaire yeetooloirwe entebe ejo'bwakabaka abiri na ina ne ku ntebe kwabbaireku abakaire abiri na bana nga batyaime, nga bavaaire engoye enjeru; ni ku mitwe jabwe engule eja zaabu. 5Ne ku ntebe nga kuvaaku okumyansia n'amadoboozi n'okubwatuuka. N'etabaaza omusanvu egy'omusio nga jaaka mu maiso g'entebe, nijo emyoyo omusanvu eja Katonda;6ne mu maiso g'entebe ng'enyanza ey'endabirwamu, efaanana nga kulusitalo; ne wakati w'entebe n'okwetooloola entebe ebiramu bina ebizwire amaiso mu byeni n'enyuma.7N'ekiramu eky'oluberyeberye kyabbaire kifaanana ng'empologoma, n'ekiramu eky'okubiri, ng'enyana, n'ekiramu eky'okusatu kyabbaire na amaiso ng'ag'omuntu, n'ekiramu eky'okuna kyabbaire kifaanana ng'empungu ebuuka. 8N'ebiramu ebina, nga birina buli kimu ebiwaawa mukaaga, bizwire amaiso enjuyi jonajona ne ne mukati: so bibulaku kuwumula emisana n'obwire nga bitumula nti Omutukuvu, Omutukuvu, Omutukuvu, Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonabyona, eyabbairewo era abbaawo era aiza okubbaawo9Era ebiramu bwe birimuwa ekitiibwa n'eitendo n'okwebalya oyo atyaime ku ntebe, omulamu emirembe n'emirembe, 10abakaireabiri na bana balifukamira mu maaso g'oyo atyaime ku ntebe, era balisinzia oyo omulamu emirembe n'emirembe, era balisuula engule jabwe mu maiso g'entebe, nga batumula nti 11Osaaniire iwe, Mukama waisu, Katonda waisu, okuweebwanga ekitiibwa n'eitendo n'obuyinza: kubanga iwe wabitondere byonabyona, era byabbairewo lwo kusiima kwo, era byatondeibwe
1Ne mbona mu mukono omuliiro ogw'oyo eyabbaire atyaime ku ntebe ekitabo ekiwandiikibwe mukati ne kungulu, ekisibiibwe einu obubonero omusanvu. 2Ne mbona malayika ow'amaani ng'abuulira n'eidoboozi inene nti Yani asaanire okwanjululya ekitabo n'okubiikula obubonero bwakyo omusanvu?3Ne watabbawo mu igulu waire ku nsi waire wansi w'ensi, eyasoboire okubikula ekitabo, waire okukiringirira. 4Nzena ne nkunga inu amaliga, kubanga tewabonekere eyasaanire okwanjululya ekitabo, waire okukiringirira: 5omumu ku bakaire n'ankoba nti Tokunga: Bona, Empologoma ow'omu kika kya Yuda, ekikolo kya Dawudi, yawangwire, okwanjululya ekitabo n'obubonero bwakyo omusanvu.6Ne mbona wakati w'entebe n'ebiramu ebina, ne wakati w'abakaire, Omwana gw'entama ng'ayemereire ng'afaanana ng'eyatiibwe, ng'alina amaziga musanvu, n'amaiso musanvu, nigyo myoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu nsi gyongyona. 7N'aiza n'akitoola mu mukono omuliiro ogw'oyo atyaime ku ntebe.8Bwe yatooire ekitabo, ebiramu ebina n'abakaire amakumi abiri na bana ne bafukamira mu maiso g'Omwana gw'entaama, buli muntu ng'alina enanga n'ebibya ebya zaabu ebizwire obubaani, nikwo kusaba kw'abatukuvu.9Ne bemba olwebo oluyaka, nga batumula nti Osaanire okutoola ekitabo n'okubikula obubonero bwakyo: kubanga waitibwe n'ogulira Katonda olw'omusaayi gwo mu buli kika n'olulimi n'abantu n'eigwanga, 10n'obafuula eri Katonda waisu obwakabaka era bakabona; era bafuga ku nsi.11Ne mbona ne mpulira eidoboozi lya bamalayika abangi abeetooloire entebe n'ebiramu n'abakaire; n'omuwendo gwabwe gwabbaire obukumi emirundi obukumi, mu enkumi emirundi enkumi; 12nga batumula n'eidoboozi inene nti Asaanire Omwana gw'entama eyaitibwe okuweebwa obuyinza n'obugaiga n'amagezi n'amaani n'eitendo n'ekitiibwa n'omukisa.13Na buli kitonde ekiri mu Igulu, ne ku nsi, ne wansi w'ensi, ne ku nyanza, n'ebirimu byonabyona ne mbiwulira byonabyona nga bitumula nti Eri oyo atyaime ku ntebe, n'eri Omwana gw'entaama, omukisa gubbenga n'eitendo n'ekitiibwa n'amaani emirembe n'emirembe. 14N'ebiramu ebina ne bitumula nti Amiina. N'abakaire ne bafukamira ne basinza.
1Ne mbona Omwana gw'etama bwe yabikwiire ku bubonero omusanvu iko akamu, nse mpulira ekimu ku biramu ebina nga kitumula ng'eidoboozi ery'okubwatuka nti iza obone. 2Ne mbona, era, bona, embalaasi enjeru, n'oyo agityaimeku ng'alina omutego; n’aweebwa engule: n'ayaba ng'awangula, era awangule.3Bwe yabiikwire akabonero ak'okubiri, ne mpulira ekiramu eky'okubiri nga kitumula nti iza obone. 4N'evaayo embalaasi egendi eya eyekisayi: era oyo eyabbaire atyaimeku n'aweebwa okutoolawo emirembe ku nsi, era baitaŋane bonka na bonka: n'aweebwa ekitala ekinene.5Bwe yabikwire akabonero ak'okusatu ne mpulira ekiramu eky'okusatu nga kitumula nti Iza obone. Ne mbona, era, bona, embalaasi engirugavu; n'eyabbaire atyaimeku ng'alina ekipimo mu mukono gwe. 6Ne mpulira ng'eidoboozi wakati w'ebiramu ebina nga litumula nti Ekiyi ky'eŋŋaano kya dinaali, n'ebiyi bisatu ebya sayiri bya dinaali; amafuta n'omwenge so tobyonoona.7Bwe yabikwire akabonero ak'okuna, ne mpulira eidoboozi ly'ekiramu eky'okuna nga kitumula nti Iza obone. 8Ne mbona, era, bona, embalaasi eya kyenvu; n'abbaire atyaimeku, eriina lye Kufa; ne Magombe n'ayaba naye. Ne baweebwa obuyinza ku kitundu eky'okuna eky'ensi, okwita n'ekitala n'enjala n'olumbe n’ensolo j'ensi.9Bwe yabikwire akabonero ak'okutaano, ne nembona wansi w'ekyoto emyoyo gyabwe abaitiibwe olw'ekigambo kya Katonda, n'olw'okutegeezia kwe baalina: 10ne batumula waigulu n'eidoboozi inene, nga batumula nti Olituusia di, Mukama, omutukuvu era ow'amazima, obutasala musango n'obutawalana igwanga olw'omusaayi gwaisu ku ibo abatyama ku nsi? 11Ne baweebwa buli muntu ekivaalo ekyeru; ne bakobebwa okuwumula kabite akaseera katono, okutuusia baidu bainaabwe ne bakoba baabwe lwe baliwera, abayaba okwitibwa, nga nabo bwe balitibwa.12Bwe yabikwire akabonero ek'omukaaga, ne mbona, ne waba ekikankano kinene; eisana n'erirugala ng'olugoye olw'ebyoya, n'omwezi gwonagwona ne gubba ng'omusaayi; 13n'emunyenye egy'omu igulu ne gigwa ku nsi, ng'omutiini bwe gukunkumula amagu gaagwo, nga gusisikibwa empewo ennyingi. 14N'eigulu ne litolebwawo, ng'omuzingo gw'ekitabo bwe guzingibwa; na buli lusozi n'ekizinga ne bitolebwawo mu bifo byabyo.15ne bakabaka b'ensi, n'abalangira, n'abagabe, n'abagaiga, n'ab'amaani, na buli mwidu n'ow'eidembe ne begisa mu mpuku ne mu mabbaale ag'oku nsozi; 16ne bakoba ensozi n'amabbaale nti Mutugweku, mutugise mu maiso g'oyo atyaime ku ntebe, ne mu busungu bw'Omwana gw'entama: 17kubanga olunaku olukulu olw'obusungu bwabwe lutukire; era yani asobola okwemererawo?
1Oluvanyuma ne mbona bamalayika bana nga bayemereire ku nsonda ina ej'ensi, nga bakwaite empewo ina ej'ensi, empewo yonayona ereke okufuwa ku nsi, waire ku nyanza, waire ku musaale gwonagwona. 2Ne mbona malayika ogondi ng'aniina okuva ebuvaisana, ng'alina akabonero ka Katonda omulamu: n'atumulira waggulu n'eiddoboozi inene ng'akoba bamalayika abana, abaaweeibwe okwonoona ensi n'enyanza, 3ng'atumula nti Temwonoona nsi, waire enyanza, waire emisaale, okutuusia lwe tulimala okuteeka akabonero abaidu ba Katonda waisu ku byeni byabwe.4Ne mpulira omuwendo gwabwe abateekeibweku akabonero, babbaire kasiriivu mu obukumi buna mu nkumi ina, abateekeibweku akabonero mu buli kika ky'abaana ba Isiraeri. 5Ab'omu kika kya Yuda abateekeibweku akabonero kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Lewubeeni kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Gaadi kakumi mu enkumi bbiri: 6Ab'omu kika kya Aseri kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Nafutaali kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Manaase kakumi mu enkumi bbiri:7Ab'omu kika kya Simyoni kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Leevi kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Isakaali kakumi mu enkumi bbiri: 8Ab'omu kika kya Zebbulooni kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Yusufu kakumi mu enkumi bbiri: Ab'omu kika kya Benyamini abateekeibweku akabonero kakumi mu enkumi bbiri.9Oluvanyuma lw'ebyo ne mbona, era bona, ekibiina kinene omuntu yenayena ky'atasobola kubala, mu buli igwanga n'ebika n'abantu n'enimi, nga bemereire mu maiso g'entebe ne mu maiso g'Omwana gw'entama, nga bavaaire ebivaalo ebyeru, amasaga g'enkindu mu mikono gyabwe; 10ne batumulira waigulu n’eidoboozi inene, nga batumula nti obulokozi bubba bwa Katonda waisu atyaime ku ntebe, n'eri Omwana gw'entama.11Ne bamalayika bonabona babbaire bemereire nga beetooloire entebe n'abakaire n'ebiramu ebina; ne bafukamira amaiso gaabwe mu maiso g'entebe, ne basinzia Katonda, 12nga ngabatumula nti Amiina: omukisa n'ekitiibwa n'amagezi n'okwebalya n'eitendo n'amaani bibenga eri Katonda waisu emirembe n'emirembe. Amiina.13Omumu ku bakaire n'airamu, ng'ankoba nti Bano abavaire ebivaalo ebyo ebyeru, niibo baani, era bava waina? 14Ne mukoba nti Mukama wange, niwe omaite N'ankoba nti Bano niibo baviire mu kubonaabona kudi okungi, ne bayozia ebivaalo byabwe, ne babitukulya mu musaayi gw'Omwana gw'entama.15Kyebaviire nibabba mu maiso g'entebe ya Katonda; ne bamuweerezianga emisana n'obwire mu yeekaalu ye: n'oyo atyaime ku ntebe alitimba eweema ye ku ibo. 16Tebalirumibwa njala kabite, so Tebalirumibwa nyonta kabite, so eisana teriribokya, waire okwokya kwonakwona: 17kubanga Omwana gw'entama ali wakati w'entebe niyeyabalisyanga, era alibaleeta eri ensulo ej'amaizi ag'obulamu: era Katonda alisangula buli iriga mu maiso gaabwe.
1Bwe Yabikwire akabonero ak'omusanvu, ne wabbawo akasiriikiriro mu igulu gulu nga kitundu kye saawa. 2Ne mbona bamalayika musanvu abayemereire mu maiso ga Katonda; ne baweebwa obugombe musanvu.3Ne malayika ogondi n'aiza n'ayemerera ku kyoto, ng'alina ekyoteryo kya zaabu; n'awebwa obubaani bungi, kaisi abuteeke mu kusaba kw'abatukuvu bonabona ku kyoto ekya zaabu ekyabbaire mu maiso g'entebe. 4N'omwoka gw'obubaani ne guniina wamu n'okusaba kw'abatukuvu nga guva mu mukono gwa malayika mu maiso ga Katonda. 5Malayika n'atwala ekyoteryo; n'akizulya omusio ogw'omu kyoto, n'akisuula ku nsi; ne waba okubwatuka n'amadoboozi n'okumyansia n'ekikankano.6Ne bamalayika omusanvu ababbaire n'obugombe omusanvu ne beeteekateeka okufuuwa. 7Malayika ow'oluberyeberye n'afuuwa, ne wabba omuzira n'omusio ebitabwirwe n'omusaayi, ne bisuulibwa ku nsi: n'ekitundu eky'okusatu eky'ensi ne kiya, n'ekitundu eky'okusatu eky'emisaale ne kiya, na buli isubi eibisi ne riya.8Malayika ow'okubiri n'afuuwa; ng'olusozi olunene olwaka omusio ne lusuulibwa mu nyanza: n'ekitundu eky'okusatu eky'enyanza ne kifuuka musaayi; 9ne bifa ekitundu eky'okusatu eky'ebitonde eby'omu nyanza, ebiramu, n'ekitundu eky'okusatu eky'ebyombo ne kizikirira.10Malayika ow'okusatu n'afuuwa, emunyeenye enene n'eva mu igulu n'egwa ng'eyaka ng'olugada, n'egwa ku kitundu eky'okusatu eky'emiiga, ne ku nsulo gy'amaizi. 11N'eriina ly'emunyenye lyetebwa Abusinso: n'ekitundu eky'okusatu eky'amaizi ne kifuuka abusinso: n'abantu bangi ne bafa olw'amaizi, kubanga gakawzibwe12Malayika ow'okuna n'afuuwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'eisana ne kikubbibwa, n'ekitundu eky'okusatu eky'omwezi, n’ekitundu eky'okusatu eky'emunyenye; ekitundu eky'okusatu ekyabyo kaisi kizikizibwe, n'eisana lireke okwaka ekitundu kyalyo eky'okusatu, n'obwire kityo.13Ne mbona, ne mpulira empungu eimu ng'ebuuka wakati w'eigulu, ng'etumula n'eidoboozi inene nti gibasangire, gibasangire, gibasangire abatuula ku nsi, olw'amadoboozi agasigaireyo ag'akagombe ka bamalayika abasatu abayaba okufuuwa.
1Malayika ow'okutaanu n'afuuwa, ne mbona emunyenye ng'eva mu igulu ng'egwa ku nsi: n'aweebwa ekisulumuzo ky'obwina obutakoma. 2N'asumulula obwina obutakoma; n'omwoka ne guva mu bwina ne guniina ng'omwoka gw'olukoomi olunene, n'eisana n'eibbanga ne bizikizibwa olw'omwoka ogw'omu bwina.3Ne mu mwoka ne muvaamu enzige ku nsi, ne giweebwa obuyinza, ng'enjaba egy'obusagwa egy'omu nsi bwe girina obuyinza. 4Ne gikobebwa obutayonoona mwido gwe nsi, waire ekintu kyonakyona ekibisi waire omusaale gwonagwona, wabula abantu bonka ababula kabonero ka Katonda ku byeni byabwe.5Ne giweebwa obutabaita, wabula okubalumira emyezi itaanu: n'okuluma kwagyo kwabbaire ng'okuluma kw'enjaba ey'obusagwa bw'eruma omuntu. 6Ne mu naku egyo abantu balisagira okufa, so tebalikubona n'akatono; era balyegomba okufa, era okufa nga kubairuka.7N'ebifaananyi by'enzige byafaananire ng'embalaasi egitegekeibwe olutalo, no ku mitwe gyagyo ng'engule egifaanana nga zaabu, n'amaiso gaagyo ng'amaiso g'abantu. 8Era gabbaire n'enziiri ng'enziiri gy'abakali, n'amaino gaagyo gabbaire ng'ag'empologoma. 9Era gyabbaire ne ebizibawo ng'ebizibawo eby'ekyoma, n'eidoboozi ly'ebiwawa byagyo ng'eidoboozi ly'amagaali, ery'embalaasi enyingi nga giifubutuka okuyingira mu lutalo.10Era girina emikira egifaanana ng'enjaba egy'obusagwa, n'emimwa; ne mu mikira gyagyo mulimu obuyinza bwagyo okulumira abantu emyezi itaanu. 11girina kabaka waagyo malayika ow'obwina obutakoma: eriina mu Lwebbulaniya Abadoni, ne mu Luyonaani alina eriina Apoliyaani. 12Obubbiibi obumu bubitire: bona, obubbiibi bubiri ate bwiza oluvanyuma.13Malayika ow'omukaaga n'afuuwa, ne mpulira eidoboozi eryaviire mu nsonda eina egy'ekyoto ekya zaabu ekiri mu maiso ga Katonda, 14ng'akoba malayika ow'omukaaga eyabbaire n'akagombe nti Sumulula bamalayika abana abasibiibwe ku mwiga omunene Fulaati. 15Bamalayika abana ne basumululwa ababbaire bategekeibwe esaawa n'olunaku n'omwezi n'omwaka, okwita ekitundu eky'okusatu eky'abantu.16N'omuwendo gw'eigye ery'abeebagala embalaasi obukumi kakumi emirundi ibiri: ne mpulira omuwendo gwabwe. 17Era bwe naboine nti embalaasi mu kwolesebwa kuno, n'abo ababbaire bagityaime ku, nga bavaaire eby'omu kifubba ng'eby'omusyo n'ebya kazigizigi n'eby'ekibiriiti: n'emitwe egy'embalaasi ng'emitwe gy'empologoma; ne mu minwa gyaagyo ne muva omusyo n'omwoka n'ekibiriiti.18Mu bibonyoobonyo ebyo byonsatu, niikwo kukoba nti omusyo n'omwoka n'ekibiriiti ebyaviire mu minwa gyagyo, ne mufiiramu ekitundu eky'okusatu eky'abantu. 19Kubanga obuyinza bw'embalaasi buli mu minwa gyagyo, ne mu mikira gyagyo: kubanga emikira gyagyo gifaanana ng'emisota, nga girina emitwe; era gye girumisya.20N'abantu abaasigairewo, abataitiibwe mu bibonyoobonyo ebyo, tibeenenyere mu bikolwa by'emikono gyabwe, obutasinza balubaale, n'ebifaananyi ebye zaabu n'ebye feeza n'eby'ebikomo n'eby'amabbaale n'eby'emisaale, ebitasobola kubona waire okuwulira, waire okutambula: 21ne bateenenya mu bwiti bwabwe, waire mu bulogo bwabwe, waire mu bwenzi bwabwe, waire mu bubbiibi bwabwe
1Ne mbona malayika ogondi ow'amaani ng'aika okuva mu igulu, ng'avaire ekireri; no musoke ng'ali ku mutwe gwe n'amaiso ge ng'eisana, n'ebigere bye ng'empagi egy'omusyo; 2era yabbaire mu mukono gwe n'akatabo akabikukire: n'ateeka ekigere kye ekiriiro ku nyanza n'ekigooda ku nsi;3n'atumulira waigulu n'eidoboozi inene ng'empologoma bw'ewuluguma: bwe yatumuliire waigulu ebibwatuka omusanvu ne bitumula amaloboozi gaabyo. 4Ebibwatuka omusanvu bwe byatumwire amaloboozi gaabyo, nabbaire nga njaba okuwandiika: ne mpulira eidoboozi eriva mu igulu, nga litumula nti Teeka akabonero ku ebyo ebibwatuka omusanvu bye bwebitumwire, so tobiwandiika.5Malayika gwe naboine ng'ayemereire ku nyanza n'oku nsi n'ayimusia omukono gwe omuliiro eri eigulu, 6n'alayira odi abba omulamu emirembe n'emirembe, eyatondere eigulu n'ebirimu, n'ensi n'ebirimu, n'enyanza n'ebirimu, nti tewalibba kiseera ate: 7naye mu naku gy'eiddoboozi lya malayika ow'omusanvu, bw'alibba ng'ayaba okufuuwa, ekyama kya Katonda kaisi nekituukirira, ng'enjiri bw'eri gye yabuuliire abaidu be banabbi.8N'eidoboozi lye nawuliire nga liva mu igulu, ne ndiwulira ate nga litumula nanze ne likoba nti yaba, otwale ekitabo ekibikukire mu mukono gwa malayika ayemereire ku nyanza no ku nsi. 9Ne njaba eri malayika, nga mukoba okumpa akatabo. N'ankoba nti Twala, okamire; era kakaaya ekida kyo, naye mu munwa gwo kaabba kawoomerevu ng'omubisi gw'enjuki.10Ne ntwala akatabo ne nkatoola mu mukono gwa malayika, ne nkamira; ne kabba mu munwa gwange kawoomerevu ng'omubisi gw'enjuki: bwe nakaliire, ekida kyange ne kikaayizibwa. 11Ne bankoba nti kikugwaniire okubuulira ate eri abantu n'amawanga n'enimi na bakabaka abangi.
1Ne mpeebwa olugada olufaanana ng'omwigo, malayika ng'atumula nti Situka, opime yeekaalu ya Katonda, n'ekyoto, n'abasinziziamu. 2N'oluya oluli ewanza we yeekaalu luleke ewanza, so tolugera; kubanga lwaweweibwe ab'amawanga: n'ekibuga ekitukuvu balikityankirira emyezi amakumi ana n'eibiri.3Nzeena ndibawa abajulizi bange babiri, era baliragulira enaku lukumi mu bibiri mu nkaaga, nga bavaire ebibukutu. 4Abo niigyo emizayituuni eibiri n'etabaaza eibiri egyemerera mu maiso ga Mukama w'ensi. 5Era omuntu yenayena bw'ataka okubakola obubbiibi, omusyo guva mu munwa gwabwe, ne gwokya abalabe baabwe: era omuntu yenayena bw'ataka okubakola obubbiibi, kityo kigwana iye okwitibwa.6Abo balina obuyinza okusiba eigulu, emaizi galekenga okutonya mu naku egy'okutegeeza kwabwe: era balina obuyinza ku maizi okugafuula omusaayi, era n'okubonyaabonya ensi n'ebibonyoobonyo byonabyona, emirundi emingi nga bwe bataka. 7Era bwe balibba nga bamalire okutegeeza kwabwe, ensolo eva mu bwina obutakoma erirwana nabo, era eribawangula, era eribaita.8N'omulambo gwabwe guli mu luguudo lw'ekibuga ekinene, ekyetebwa mu mwoyo Sodomu ne Misiri, era Mukama waabwe mwe yakomereirwe. 9Era ab'omu bantu n'ebika n'enimi n'amawanga baboneire omulambo gwabwe enaku isatu n'ekitundu, ne bataganya mirambo gyabwe okuziikibwa mu magombe.10N'abo abatyama ku nsi balisanyuka ku lwabwe, ne bajaguzia; era baliweereziagana ebirabo; kubanga banabbi abo ababiri babonyabonyezerye abatyama ku nsi. 11Oluvanyuma lw'enaku gidi eisatu n'ekitundu, omwoyo gw'obulamu oguva eri Katonda ne guyingira mu ibo ne bemerera ku bigere byabwe okutya okungi ne kugwa ku abo ababoine. 12Ne bawulira eidoboozi einene eriva mu igulu, nga libakoba nti Muniine okutuuka wano. Ne baniina mu igulu mu kireri; n'abalabe baabwe ne nebababona.13Ne mu saawa edi ne wabbaawo ekikankano ekinene, n'ekitundu eky'eikumi eky'ekibuga ne kigwa; ne baitibwa abantu kasanvu mu kikankano: n'abo abaasigairewo ne bakwatibwa entiisia, ne bawa ekitiibwa Katonda ow'omu igulu. 14Obubbiibi obw'okubiri bubitire: bona, obubbiibi obw'okusatu bwiiza mangu.15Malayika ow'omusanvu n'afuuwa; ne wabbaawo amaloboozi amanene mu igulu, nga boogera nti Obwakabaka bw'ensi bufuukire bwa Mukama waisu, era bwa Kristo we: era yabafuganga emirembe n'emirembe.16N'abakaire amakumi abiri na bana, abatyama mu maiso ga Katonda ku ntebe gyabwe egy'obwakabaka, ne bavuunama amaiso gaabwe, ne basinzia Katonda, 17nga batumula nti Tukwebalya, iwe Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonabyona, abbaawo era eyabbairewo; kubanga otwaire amaani go amangi, n'ofuga.18Amawanga ne gasunguwala, n'obusungu bwo ne bwiiza, n'entuuko egy'okusaliramu omusango gw'abafu, n'egy'okuweeramu empeera yaabwe abaidu bo banabbi, n'abatukuvu, n'abatya eriina lyo, abatobato n'abakulu; n'egy'okwonooneramu aboonoona ensi.19Ne yeekaalu ya Katonda ey'omu igulu n'ebikulwa; ne waboneka mu yeekaalu ye esanduuku y'endagaanu ye; ne wabbaawo okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka n'ekikankano n'omuzira mungi.
1ne gwemerera ku musenyu gw'enyanza. Ne mbona ensolo ng'eva mu nyanza, erina amaziga ikumi n'emitwe musanvu, ne ku maziga gaayo nga kuliku engule ikumi, no ku mitwe gyayo amaina ag'obuvooli. 2N'ensolo gye naboine yabbaire faanana ng'engo, n'ebigere byayo ng'ebye idubu, omunwa gwayo ng'omunwa gw'empologoma: n'ogusota niigwo gwagiwaire amaani gaayo, n'entebe yaayo ey'obwakabaka, n'obuyinza obungi.3Ne mbona omutwe ogumu ku mitwe gyagwo nga gufumitiibwe okufa; n'ekiwundu eky'okufa ne kiwona: n'ensi gyonagyona ne gisengererya ensolo eyo nga gyewuunya; 4ne basinza ogusota, kubanga gwawaire ensolo obuyinza bwayo, ne basinza ensolo, nga batumula nti Yani afaanana ng'ensolo? era yani asobola okulwana nayo?5n'eweebwa omunwa okutumula ebikulu n'obuvooli; n'eweebwa obuyinza okumala emyezi ana na ibiri. 6N'eyasamya omunwa gwayo okuvoola Katonda, okuvoola eriina lye, n'eweema ye, n'abatyama mu igulu.7N'eweebwa okulwana n'abatukuvu, n'okubawangula: n'eweebwa obuyinza ku buli kika n'abantu n'olulimi n'eigwanga. 8Era bonabona abatyama mu nsi baligisinza, buli atawandiikiibwe eriina lye mu kitabo ky'obulamu eky'Omwana gw'entama eyaitiibwe okuva ku kutondebwa kw'ensi. 9Omuntu yenayena bw'abba n'ekitu awulire.10Omuntu yenayena bw'ataka okunyaga, anyagibwa: omuntu yenayena bw'aita n'ekitala, kimugwanira yeena okwitibwa n'ekitala. Awo niiwo awali okugumiinkirizia n'okwikirirya kw'abatukuvu.11Ne mbona ensolo egendi ng'eva mu nsi; era yabbaire n'amaziga mabiri agafaanana ng'ag'omwana gw'entama, n'etumula ng'ogusota. 12N'ekolya obuyinza bwonabwona obw'ensolo ey'oluberyeberye mu maiso gaayo. N'esinzisia ensi n'abatyamamu ensolo ey'oluberyeberye, eyawonere ekiwundu eky'okufa.13N'ekola obubonero bunene, era okwikya omusyo okuva mu igulu ku nsi mu maiso g'abantu. 14N'ebbeya abatyama ku nsi olw'obubonero bwe yaweweibwe okukola mu maiso g'ensolo; ng'ekoba abatyama ku nsi, okukolera ensolo ekifaananyi, erina ekiwundu eky'ekitala n'ebba namu.15N'eweebwa okuwa ekifaananyi eky'ensolo okwikya omwoka, ekifaananyi eky'ensolo kaisi kitumule, era kikye bonabona abatasinzirye kifaananyi kye nsolo. 16N'ewalirizia bonabona, abatobato n'abakulu, n'abagaiga n'abaavu, n'ab'eidembe n'abaidu okuweebwa enkovu ku mukono gwabwe omuliiro oba ku byeni byabwe; 17era omuntu yenayena aleke okusobola okugula waire okutunda, wabula oyo amalire okuteekebwaku akabonero, eriina ly'ensolo oba omuwendo gw'eriina lyayo. 18Awo niiwo awali amagezi. Alina okutegeera abalirire omuwendo gw'ensolo; kubanga niigwo muwendo gw'omuntu: n'omuwendo gwayo Lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.
1Akabonero akanene ne kaboneka mu igulu, omukali ng'avaaire eisana, n'omwezi nga guli wansi w'ebigere bye, no ku mutwe gwe nga kuliku engule ey'emunyenye ikumi na ibiri; 2era ng'ali kida: n'akunga ng'alumwa era ng'abalagalwa okuzaala.3Ne waboneka akabonero akandi mu igulu; era, bona, ogusota ogumyufu ogunene, ogulina emitwe omusanvu n'amaziga ikumi, no ku mitwe gyagwo engule musanvu. 4N'omukira gwagwo ne guwalula ekitundu eky'okusatu eky'emunyenye egy'omu igulu, ne gugisuula ku nsi: ogusota ne gwemerera mu maiso g'omukali, eyabbaire ayaba okuzaala, bw'alizaala, kaisi guliire dala omwana we.5N'azaala omwana ow'obwisuka, ayaba okufuga amawanga gonagona n'omwigo ogw'ekyoma: n'omwana we n'akwakulibwa n'atwalibwa eri Katonda, n'eri entebe ye ey'obwakabaka. 6N'omukali n'airuka n'atuuka mu idungu, gye yabbaire n'ekifo ekyateekeibweteekeibwe Katonda, kaisi bamuliisilyenga eyo enaku lukumi mu bikumi bibiri mu nkaaga.7Ne waba olutalo mu igulu: Mikaeri ne bamalayika be nga batabaala okulwana n'ogusota; ogusota ne gulwana na bamalayika baagwo; 8ne batasobola, so ne wataboneka kifo kyabwe ate mu igulu.9N'ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw'eira, ogwetebwa Omulyolyomi era Setaani, ow'obubbeyi w'ensi gyonagyona; ne gusuulibwa ku nsi, na bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo. 10Ne mpulira eidoboozi inene mu igulu, nga litumula nti Atyanu obulokozi bwizire n'amaani n'obwakabaka bwa Katonda waisu, n'obuyinza bwa Kristo we: kubanga aloopa bagande baisu yasuuliibwe, abaloopa mu maiso ga Katonda waisu emisana n'obwire.11Boona baamuwangwire olw'omusaayi gw'Omwana gw'entama, n'olw'ekigambo eky'obujulizi bwabwe; ne batataka bulamu bwabwe Okutuusia okufa. 12Kale musanyuke, eigulu n'abatyamamu. Gibasangire ensi n'enyanza: kubanga Omulyolyomi aikire gye muli ng'alina obusungu bungi, ng'amaite ng'alina akaseera katono.13Ogusota bwe gwaboine nga gusuuliibwe ku nsi, ne guyiganya omukali eyazaire omwana ow'obwisuka. 14Omukali n'aweebwa ebiwawa bibiri eby'empungu enene, kaisi abuuke okutuuka mu idungu mu kifo kye, gy'aliisizibwa ekiseera n'ebiseera n'ekitundu ky'ekiseera, mu maiso g'omusota.15N'omusota ne guwandula okuva mu munwa gwagwo enyuma w'omukali amaizi ng'omwiga, kaisi gumutwalye omwiga. 16Ensi n'eyamba omukali, ensi n'eyasama omunwa gwayo, n’enywa omwiga ogusota gwe gwawandwure okuva mu munwa gwagwo. 17Ogusota ne gusunguwalira omukali, ne gwaba okulwana n'ab'omu izaire lye abaasigairewo abakwata ebiragiro bya Katonda, era abalina okutegeeza kwa Yesu:18Awo niiwo awali amagezi. Alina okutegeera abalirire omuwendo gw'ensolo; kubanga niigwo muwendo gw'omuntu: n'omuwendo gwayo lukaaga mu mukaga
1Ne mbona, era, bona, Omwana gw'entama ng'ayemereire ku lusozi Sayuuni, era wamu naye akasiriivu mu bukumi buna mu nkumi ina, nga balina eriina lye n'eriina lya Itaaye nga liwandiikiibwe ku byeni byabwe. 2Ne mpulira eidoboozi eriva mu igulu, ng'eidoboozi ly'amaizi amangi, era ng'edoboozi ly'okubwatuka okunene: n'eidoboozi lye nawuliire ng'ery'abakubbi b'enanga nga bakubba enanga gyabwe:3ne bemba ng'olwembo oluyaka mu maiso g'entebe ey'obwakabaka, ne mu maiso g'ebiramu ebina n'abakaire; so wabula muntu eyasoboire okwega olwembo olwo wabula akasiriivu mu obukumi buna mu enkumi eina, abaagulibwe mu nsi. 4Abo niibo bateeyonoonere eri abakali; kubanga tebamanyanga mukali. Abo niibo abasengereirye Omwana gw'entama buli gy'ayaba. Abo baguliibwe mu bantu okubba ebibala eby'oluberyeberye eri Katonda n'eri Omwana gw'entama. 5Era mu munwa gwabwe temwabonekere bubbeyi: babulaku buleme.6Ne mbona malayika ogondi ng'abuuka mu ibbanga ery'omu igulu ng'alina enjiri ey'emirembe n'emirembe, okubuulira abatyama ku nsi na buli igwanga n'ekika n'olulimi n'abantu, 7ng'atumula n'eidoboozi inene nti Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky'omusango gwe kituukire: mumusinze eyakolere eigulu n'ensi n'enyanza n'ensulo gy'amazzi.8No malayika ogondi ow'okubiri n'asengererya, ng'atumula nti Kigwire kigwire Babulooni ekinene ekyanywisirye amawanga gonagona ku mwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwakyo.9No malayika ogondi ow'okusatu n'abasengererya, ng'atumula n'eidoboozi inene nti Omuntu yenayena bw'asinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, era bw'aikirirya enkovu ku kyeni kye, oba ku mukono gwe, 10oyo yeena alinywa ku mwenge ogw'obusungu bwa Katonda, ogufukibwa ogutatabulwamu maizi mu kikompe eky'obusungu bwe; era alibonyaabonyezebwa mu musyo n'ekibiriiti mu maiso ga bamalayika abatukuvu ne mu maiso g'Omwana gw'entama:11n'omwoka ogw'okubonyaabonyezebwa kwabwe gunyooka emirembe n'emirembe; so gubula kuwumula emisana n'obwire abasinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, na buli aikirirya enkovu y'eriina lyayo. 12Awo niiwo awali okugumiinkirizia kw'abatukuvu, abakwata ebiragiro bya Katonda n'okwikirirya kwa Yesu.13Ne mpulira eidoboozi eriva mu igulu nga litumula nti Wandiika nti Baweweibwe omukisa abafu abafiira mu Mukama waisu okutandiika atyanu; niiwo awo, bw'atumula Omwoyo, kaisi bawumule mu kutegana kwabwe; kubanga ebikolwa byabwe byaba nabo.14Ne mbona, era, bona, ekireri ekyeru; ne ku kireri ne mbona atyaimeku eyabbaire afaanana ng'omwana w'omuntu, ng'alina ku mutwe gwe engule eya zaabu, ne mu mukono gwe ekiwabyo eky'obwogi. 15No malayika ogondi n'ava mu yeekaalu, ng'atumulira waigulu n'eidoboozi inene ng'akoba oyo atyaime ku kireri nti Teekaku ekiwabyo kyo, okungule: kubanga ekiseera eky'okukunguliramu kituukire, kubanga ebikungulwa eby'ensi bikalire. 16N'oyo atyaime ku kireri n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'ensi n'ekungulibwa.17No malayika ogondi n'ava mu yeekaalu ey'omu igulu, yeena ng'alina ekiwabyo eky'obwogi. 18No malayika ogondi n'ava ku kyoto, niiye yabbaire n'obuyinza ku musyo; n'atumulira waigulu n'eidoboozi inene ng'akoba oyo eyabbaire n'ekiwabyo eky'obwogi, ng'atumula nti Teekaku ekiwabyo kyo eky'obwogi, onoge ebirimba by'omuzabbibu gw'ensi; kubanga eizabbibu lyagwo lyengere dala.19No malayika n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'anoga omuzabbibu gw'ensi, n'akisuula mu isogolero einene ery'obusungu bwa Katonda. 20N'eisogolero ne lirininirirwa ewanza w'ekibuga, n'omusaayi ne guva mu isogolero, okutuuka ku nkoba gy'embalaasi, n'okutuuka amabbanga lukumi mu lukaaga.
1Ne mbona akabonero akandi mu igulu akanene ak'ekitalo, bamalayika musanvu nga balina ebibonyoobonyo musanvu eby'enkomerero, kubanga mu ebyo obusungu bwa Katonda mwe butuukiririra.2Ne mbona ng'enyanza y'endabirwamu etabwirwemu omusyo; abava eri ensolo n'ekifaananyi kyayo n'omuwendo gw'eriina lyayo nga bawangwire, nga bemereire ku nyanza y'endabirwamu, nga balina enanga gya Katonda.3Ne bemba olwembo lwa Musa omwidu wa Katonda, n'olwembo lw'Omwana gw'entama, nga batumula nti Bikulu era bye kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonabyona; go butuukirivu era ga mazima amangira go, iwe Kabaka ow'emirembe n'emirembe. 4Yani atalitya, Mukama, n'ataliwa kitiibwa eriina lyo? kubanga iwe wenka niiwe mutukuvu; kubanga amawanga gonagona galiiza era galisinzizia mu maiso go; kubanga ebikolwa bye eby'obutuukirivu bibonekere.5Oluvanyuma lw'ebyo ne mbona, yeekaalu eya weema ey'obujulizi mu igulu n'ebiikulwa: 6ne muva mu yeekaalu bamalayika omusanvu abalina ebibonyoobonyo omusanvu nga bavaire amabbaale, amalongoofu agamasamasa, era nga basibiibwe mu bifubba enkoba egya zaabu.7Ekimu eky'oku biramu ebina ne kiwa bamalayika omusanvu ebibya musanvu ebya zaabu nga bizwire obusungu bwa Katonda, abba omulamu emirembe n'emirembe. 8Ne yeekaalu n'eizula omwoka oguva mu kitiibwa kya Katonda ne mu maani ge; so wabula muntu eyasoboire okuyingira mu yeekaalu, okutuusia ebibonyoobonyo omusanvu bya bamalayika omusanvu lwe byatuukiriire.
1Ne mpulira eidoboozi einene eriva mu yeekaalu, nga likoba bamalayika omusanvu nti Mwabe, mufuke ebibya omusanvu by'obusungu bwa Katonda ku nsi.2Ow'oluberyeberye n'ayaba, n'afuka ekibya kye ku nsi; ne wabaawo eibbwa eibbiibi eizibu ku bantu abalina enkovu y'ensolo, era abasinza ekifaananyi kyayo.3Ow'okubiri n'afuka ekibya kye mu nyanza; ne wabaawo omusaayi ng'ogw'omufu, na buli mwoyo omulamu ne gufa, n'ebyo ebyabbaire mu nyanza.4Ow'okusatu n'afuka ekibya kye ku miiga ne mu nsulo gy'amaizi, ne wabaawo omusaayi. 5Ne mpulira malayika w'amaizi ng'atumula nti Niiwe mutuukirivu, niiwe abbaawo era eyabbairewo, niiwe Mutukuvu, kubanga wasalire omusango otyo: 6kubanga bafukire omusaayi gw'abatukuvu n'ogwa banabbi, omusaayi gwe gw'obawaire okunywa: basaaniire. 7Ne mpulira ekyoto nga kitumula nti niiwo awo, Mukama Katonda, Omuyinza w'ebintu byonabyona, gya mazima era gye nsonga emisango gyo.8Ow'okuna n'afuka ekibya kye ku isana; n'eweebwa okwokya abantu n'omusyo. 9Abantu ne bookyebwa okwokya okunene: ne bavuma eriina lya Katonda alina amaani ku bibonyoobonyo ebyo; ne bateenenya okumuwa ekitiibwa.10Ow'okutaano n'afuka ekibya kye ku ntebe y'obwakabaka ey'ensolo obwakabaka bwayo ne buzikizibwa: ne beeruma enimi gyabwe olw'obulumi, 11ne bavuma Katonda ow'omu igulu olw'obulumi bwabwe n'olw'amabbwa gaabwe, so tibeenenyere mu bikolwa byabwe.12Ow'omukaaga n'afuka ekibya kye ku mwiga omunene Fulaati; amaizi gaagwo ne gakala, engira ya bakabaka abava ebuva isana kaisi eteekebweteekebwe. 13Ne mbona nga giva mu munwa gw'ogusota, ne mu kanwa gw'ensolo, ne mu munwa gwa nabbi w'obubbeyi, emyoyo emibbiibi isatu, nga giri ng'ebikere: 14kubanga niigyo emizimu gya balubaale, egikola obubonero; egyaba eri bakabaka b'ensi gyonagyona, okubakuŋaanya eri olutalo olw'oku lunaku olukulu olwa Katonda, Omuyinza w'ebintu byonabyona.15(bona, ngiza ng'omwibbi. Aweweibwe omukisa amoga, n'akuuma ebivaalo bye, aleke okwaba obwereere, era baleke okubona ensoni gye.) 16Ne gibakuŋaanyirya mu kifo ekyetebwa mu Lwebulaniya Amagedoni.17Ow'omusanvu n'afuka ekibya kye ku ibbanga; eidoboozi einene ne liva mu yeekaalu, mu ntebe y'obwakabaka, nga litumula nti Kikoleibwe: 18ne wabbaawo okumyansia n'amadoboozi n'okubwatuka; ne wabbaawo ekikankano ekinene, nga tekibbangawo kasookede abantu babba ku nsi, ekikankano ekinene, ekikulu kityo. 19N'ekibuga ekinene ne kyawukanamu ebitundu bisatu, n'ebibuga eby'amawanga ne bigwa: ne Babulooni ekinene ne kijukirwa mu maiso ga Katonda, okukiwa okunywa ekikompe eky'obukambwe bw'obusungu bwe.20Na buli kizinga ne kiiruka, so n'ensozi tegyabonekere. 21N'omuzira omunene, buli mpeke ng'obuzito obwa talanta, ne gwika okuva mu igulu ku bantu: n'abantu ne bavoola Katonda olw'ekibonyoobonyo eky'omuzira; kubanga ekibomyoobonyo kyagwo kinene inu.
1Ne waiza omumu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, n'atumula nanze, ng'akoba nti Iza wano, nzeena nakulaga omusango gw'omwenzi omukulu atyama ku maizi amangi; 2bakabaka b'ensi gwe bwenda naye, n'abo abatyama ku nsi ne batamiira omwenge gw'obwenzi bwe.3N'antwala mu idungu mu Mwoyo: ne mbona omukali, ng'atyaime ku nsolo emyuufu, ng'eizwire amaina ag'obuvooli, ng'erina emitwe musanvu n'amaziga ikumi. 4Omukali ng'avaire olugoye olw'efulungu n'olumyufu, era n'ayonjebwa ne zaabu n'amabbaale ag'omuwendo omungi ne luulu, ng'alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekizwire emizizo, niiyo mpitambibbi ey'obwenzi bwe, 5no ku kyeni kye eriina eriwandiikiibwe nti EKYAMA, BABULOONI EKINENE, MAAYE W'ABENZI ERA OW'EMIZIZO GY'ENSI.6Ne mbona omukali oyo ng'atamiire omusaayi gw'abatukuvu, n'omusaayi gw'abajulirwa ba Yesu. Bwe bamubona, ne neewuunya okwewuunya kunene. 7Malayika n'ankoba nti kiki ekikwewuunyisia? Nze naakukobera ekyama ky'omukali, n'eky'ensolo emusitwire, erina emitwe musanvu n'amaziga ikumi.8Ensolo gye waboine yabbairewo era nga ebulawo era eyaba okuva mu bwina obutakoma n'okwaba mu kugota. N'abo abatyama ku nsi balyewuunya, abataawandiikiibwe liina lyabwe mu kitabo ky'obulamu kasookede ensi eteekebwawo, bwe balibona ensolo nga yabbairewo era nga tekaali eriwo ate eribbaawo.9Awo niiwo awali omwoyo ogulina amagezi. Emitwe omusanvu niigyo ensozi omusanvu, omukali gy'atyaimeku; 10era niibo bakabaka omusanvu; abataanu baweire, omumu aliwo, ogondi akaali kwiza; era bw'aliiza, kimugwanira okumalawo ebiseera bitono.11N'ensolo eyabbairewo era ebulawo, oyo yeena niiye w'omunaana, naye iye w'omusanvu, era ayaba mu kugota.12N'amaziga eikumi ge waboine niibo bakabaka eikumi, abakaali kuweebwa obwakabaka; naye baweweibwe obuyinza nga bakabaka, awamu n'ensolo, ogondi esaawa eimu. 13Abo balina okuteesia kumu, ne bawa ensolo amaani gaabwe n'obuyinza. 14Abo balirwana n'Omwana gw'entama, n'Omwana gw'entama alibawangula, kubanga niiye Mukama w'abaami, era niiye Kabaka wa bakabaka; era n'abo abali awamu naye, abayeteibwe, abalonde, abeesigwa. N'ankoba nti Amaizi ge waboine, omwenzi w'atyaime, niibo abantu n'ebibiina n'amawanga n'enimi.15N'ankoba nti Amaizi g'oboine, omwenzi w'atyaime, niibo abantu n'ebibiina n'amawanga n'enimi.16N'amaziga eikumi ge waboine, n'ensolo, bano balikyawa omwenzi, balimulekesiawo, balimufuula mwereere, balirya enyama ye, era balimwokyeria dala omusyo. 17Kubanga Katonda yatekere mu myoyo gyabwe okukola kye yateeserye, n'okuteesia awamu, n'okuwa ensolo obwakabaka bwabwe, okutuusia ebigambo bya Katonda lwe birituukirira18N'omukali gwe waboine niikyo ekibuga ekinene, ekirina obwakabaka ku bakabaka b'ensi.
1Oluvanyuma lw'ebyo ne mbona malayika ogondi ng'aika okuva mu igulu, ng'alina obuyinza bungi; n'ensi n'emulisibwa ekitiibwa kye. 2N'atumulira waigulu n'eidoboozi ery'amaani, ng'atumula nti Kigwire, kigwire Babulooni ekinene, ne kifuuka kisulo kya balubaale, n'eikomera erya buli dayimooni, n'eikomera erya buli nyonyi embibbi ekyayibwa. 3Kubanga olw'omwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwe amawanga gonagona gagwire; na bakabaka b'ensi ne benda naye, n'abatundi b'ensi ne bagaigawala olw'amaani g'obukaba bwe.4Ne mpulira eidoboozi erindi eriva mu igulu, nga litumula nti Mukifulumemu, abantu bange, muleke okwikirirya ekimu n'ebibbiibi bye era muleke okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: 5kubanga ebibbiibi bye bituukire mu igulu, era Katonda aijukiire ebyonoono bye. 6Mumusasule oyo nga yeena bwe yasaswiire, era mumwongereku emirundi ibiri ng'ebikolwa bye bwe byabbaire: mu kikompe kye yatambwire mumutabulire emirundi ebiri.7Nga bwe yeegulumizia n'akabawala, mumuwe mutyo okubonaabona n'okunakuwala; kubanga atumula mu mu mwoyo gwe nti Ntyaime nga kabaka, so tindi namwandu, so tindibona enaku n'akatono. 8Kyebiriva biiza mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n'enaku, n'enjala; era alyokyebwa dala omusyo; kubanga Mukama Katonda wa maani eyamusaliire omusango.9Era bakabaka b'ensi, abayendere na bakabawala naye, balikunga balikubba ebiwoobe ku lulwe, bwe balibona omwoka ogw'okwokyebwa kwe, 10nga bemereire wala olw'entiisia ey'okubonaabona kwe, nga batumula nti Gibasangire, gibasangire, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky'amaani, kubanga mu saawa imu omusango gwo gutuukire.11N'abatundi ab'omu nsi bakunga banakuwala ku lulwe kubanga wabula muntu akaali agula obuguzi bwabwe; 12obuguzi bwa zaabu, ne feeza, n'amabbaale ag'omuwendo, ne luulu, ne bafuta ensa, n'olugoye olw'efulungu, ne aliiri, n'olugoye olumyufu; na buli musaale ogw'omusita, na buli kintu eky'eisanga, na buli kintu eky'omusaale ogw'omuwendo omungi einu, n'eky'ekikomo, n'eky'ekyoma, n'eky'eibbaale eisa; 13n'eky'akaloosa, n'ebinzaali, n'obubaani, n'omuzigo gw'omusita, n'envumbo, n'omwenge, n'amafuta, n'obwita obusa, n'eŋaanu, n'ente n'entama; n'obuguzi bw'embalaasi n'amagaali n'abaidu; n'emyoyo gy'abantu.14N'ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuviireku, n'ebintu byonabyona ebiwooma n'ebisa bikuviireku, so tebakaali babona ate.15Abatundi b'ebyo, niibo beyagaigawairye, balyemerera wala olw'entiisia y'okubonaabona kwe, nga bakunga nga banakuwala; 16nga batumula nti Gibasangire; gibasangire, ekibuga ekinene, ekyavaalisiibwe bafuta ensa n'olugoye olw'efulungu n'olumyufu, era ne kiyonjebwa ne zaabu n'amabbaale ag'omuwendo ne luulu! 17kubanga mu saawa imu obugaiga obungi nga buno buzikiriire. Na buli mubbinga na buli atambula wonawona mu lyato n'abalunyanza ne bonabona abakola emirimu egy'omu nyanza, ne bemerera wala,18ne batumulira waigulu bwe baboine omwoka ogw'okwokyebwa kwe, nga batumula nti Kiruwa ekifaanana ng'ekibuga ekinene? 19Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne batumulira waigulu nga bakunga nga banakuwala, nga batumula nti Gibasangire, gibasangire, ekibuga ekinene, bonabona kye bagaigawaliramu abaalina ebyombo mu nyanza olw'omuwendo gwe omusa, kubanga mu saawa imu gwazikiriire. 20Mumusanyukire, eigulu mweena abatukuvu mweena abatume mweena banabbi; kubanga Katonda amusaliire omusango gwanyu.21Malayika ow'amaani n'asitula eibbaale einene ng'olubengo olunene, n'alisuula mu nyanza, ng'atumula nti Babulooni, ekibuga ekinene, bwe kirisuulibwa kityo n'okutandagirwa okunene, so tekiriboneka ate. 22Waire eidoboozi ly'abakubbi b'enanga n'abalina ebivuga n'abafuuwa emirere n’abafuuwa amakondeere tiririwulirwa ate mu iwe; waire omugezi w'emirimu gyonagyona taliboneka ate mu igwe; waire eidoboozi ly'olubengo teririwulirwa ate mu igwe;23waire okutangaala kw'etabaaza tekulitangaala ate mu iwe; waire eidoboozi ly'akwa omugole n'ery'omugole teririwulirwa ate mu iwe; kubanga abatundi niibo babbaire balangira b'ensi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonagona gabbeyebwa. 24Era n'omusaayi gwa banabbi n'abatukuvu n'ogwa bonabona abaitiibwe ku nsi gwabonekere mu iye.
1Oluvanyuma lw'ebyo ne mpulira ng'eidoboozi einene ery'ekibiina ekinene mu igulu, nga batumula nti Aleruuya; Obulokozi, n'ekitiibwa, n'obuyinza niibyo bya Katonda waisu: 2kubanga emisango gye gya mazima era gye nsonga; kubanga asaliire omusango omwenzi omukulu, eyayonoonere ensi n'obwenzi bwe, era awooleire eigwanga ly'omusaayi gw'abaidu be mu mukono gw'oyo.3Omulundi ogw'okubiri ne batumula nti Aleruuya. N'omwoka niigwo gunyooka emirembe n'emirembe. 4N'abakaire amakumi abiri na bana n'ebiramu ebina ne bavuunama ne basinza Katonda atyama ku ntebe, nga batumula nti Amiina; Aleruuya.5N'eidoboozi ne liva mu ntebe, nga litumula nti Mutendereze Katonda waisu, imwe mwenamwena abaidu be, abamutya, abatobato n'abakulu.6Ne mpulira ng'eidoboozi ly'ekibiina ekinene, era ng'eidoboozi ly'amaizi amangi, era ng'eidoboozi ly'okubwatuka okw'amaani, nga batumula nti Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waisu Omuyinza w'ebintu byonabyona afuga7Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa iye: kubanga obugole bw'Omwana gw'entama butuukire, no mukali we yeeteekereteekere. 8N'aweebwa okuvaala bafuta entukuvu ensa: kubanga bafuta eno niibyo ebikolwa eby'obutuukirivu eby'abatukuvu.9N'ankoba nti Wandiika nti Baweweibwe omukisa abetebwa ku mbaga ey'obugole bw'Omwana gw'entama. N'ankoba nti Ebyo niibyo ebigambo eby'amazima ebya Katonda. 10Ne nfukamira mu maiso g'ebigere bye okumusinza. N’ankoba nti bona tokola otyo: Ndi mwidu mwinawo era ow'omu bagande bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda: kubanga okutegeeza kwa Yesu niigwo mwoyo gw'obunabbi11v11 Ne mbona eigulu nga libikukire; era, bona, embalaasi enjeru n'eyabbaire agityaimeku, ayetebwa mwesigwa era ow'amazima; no mu butuukirivu asala emisango era alwana. 12Era amaiso ge niigwo musyo ogwaka, no ku mutwe gwe engule nyingi; era ng'alina eriina eriwandiikiibwe, omuntu yenayena ly'atamaite wabula iye yenka. 13Era ng'avaire ekivaalo ekyamansiirweku omusaayi: n'eriina lye ne lyetebwa Kigambo kya Katonda.14N'eigye ery'omu igulu ne limusengererya ku mbalaasi enjeru, nga bavaire bafuta enjeru ensa. 15Ne mu munwa gwe muvaamu ekitala eky'obwogi ateme amawanga nakyo: era alibafuga n'omwigo ogw'ekyoma: era aniina eisogolero ly'omwenge gw'obusungu bw'obukambwe bwa Katonda Omuyinza w'ebintu byonabyona. 16Era alina ku kivaalo kye ne ku kisambi kye eriina eriwandiikiibwe nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.17Ne mbona malayika ng'ayemereire mu isana; n'atumulira waigulu n'eidoboozi inene, ng'akoba enyonyi gyonagyona egibuuka mu ibbanga nti Mwize mukuŋaane ku mbaga enkulu eya Katonda; 18kaisi mulye enyama ya bakabaka, n'enyama ey'abagabe, n'enyama ey'ab’amaani, n'enyama ey'embalaasi n’ey'abo abagityamaku, n'enyama eya bonabona ab'eidembe era n'abaidu, abatobato n'abakulu.19Ne mbona ensolo, na bakabaka b’ensi, n'eigye lyabwe nga bakuŋaine okulwana n'oyo eyabbaire atyaime ku mbalaasi n'eigye lye. 20Ensolo n’ekwatibwa era wamu nayo nabbi ow'obubbeyi eyakolere obubonero mu maiso gaayo bwe yabbeyeserye abo abaikirirya enkovu y'ensolo, n'abo abasinza ekifaananyi kyayo: bombiri ne basuulibwa nga balamu mu nyanza ey'omusyo eyaka n'ekibiriiti:21n'abaasigairewo ne baitibwa n'ekitala ky'oyo eyabbaire atyaime ku mbalaasi, ekiva mu munwa gwe: n'enyonyi gyonagyona ne giikuta ku nyama yaabwe.
1Ne mbona malayika ng'aika okuva mu igulu, ng'alina ekisumuluzo ky'obwina obutakoma n'olujegere olunene mu mukono gwe. 2N'akwata ogusota, omusota ogw'eira, niiye Mulyolyomi era Setaani, n'agusibira emyaka lukumi, 3n'agusuula mu bwina obutakoma n'aigalawo n'ateekaku akabonero, gulekenga okubbeya amawanga ate, okutuusia emyaka lukumi lwe giriwawo; oluvanyuma lwagyo kigugwanira okusumululibwa ebiseera bitono.4Ne mbona entebe egy'obwakabaka, nga kuliku abatyaimeku, ne baweebwa okusala omusango; n'emyoyo gyabwe abaatemeibweku emitwe olw'okutegeezia kwa Yesu n'olw'ekigambo kya Katonda, n'abo abatasinzirye nsolo waire ekifaananyi kyayo, so tebaikirirye nkovu ku kyeni kyabwe ne ku mukono gwabwe ne babba balamu, ne bafugiranga wamu ne Kristo emyaka lukumi.5Abafu abandi tebabbaire balamu okutuusia emyaka olukumi lwe gyaweire. Kuno niikwo kuzuukira okw'oluberyeberye. 6Aweweibwe omukisa, era niiye omutukuvu alina omugabo mu kuzuukira okw'oluberyeberye: okufa okw'okubiri kubula buyinza ku ibo, naye baabbanga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era bafugiranga wamu naye emyaka lukumi.7Awo, emyaka egyo olukumi bwe giriwa, Setaani kaisi asumululwa mu ikomera lye, 8era alyaba okubbeya amawanga ag'omu nsonda eina egy'ensi, Googi ne Magoogi, okubakuŋaanya ku lutalo: omuwendo gwabwe ng'omusenyu gw'enyanza.9Ne baniina ku bugazi bw'ensi, ne bazingizia olusiisira olw'abatukuvu n'ekibuga ekitakibwa: omusyo ne gwika okuva mu igulu, ne gubookya. 10N'omulyolyomi eyababbeyanga n'asuulibwa mu nyanza ey'omusyo n'ekibiriiti, era omuli ensolo no nabbi ow'obubbeyi; era babonyaabonyezebwanga emisana n'obwire emirembe n'emirembe.11Ne mbona entebe ey'obwakabaka enene enjeru, n'oyo eyabbaire agityaimeku, eigulu n'ensi ne biruka mu maiso ge; n'ekifo kyabyo tekyabbaire. 12Ne mbona abafu, abakulu n'abatobato, nga bemereire mu maiso g'entebe; ebitabo ne bibikulwa: n'ekitabo ekindi ne kibikulwa, nookyo ky'obulamu: abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawandiikiibwe mu bitabo, ng'ebikolwa byabwe bwe byabbaire.13N'enyanza n'ereeta abafu abalimu, n'okufa n'Amagombe ne bireeta abafu abalimu: ne basalirwa omusango buli muntu ng'ebikolwa byabwe bwe byabbaire. 14N'okufa n'Amagombe ne bisuulibwa mu nyanza ey'omusyo. Eyo niikwo kufa okw'okubiri, enyanza ey'omusyo. 15Era omuntu yenayena atabonekere ng'awandiikiibwe mu kitabo eky'obulamu, n'asuulibwa mu nyanza ey'omusyo.
1Ne mbona eigulu eiyaaka n'ensi enjaaka: kubanga eigulu ery'oluberyeberye n'ensi ey'oluberyeberye nga byabire: n'enyanza nga ebulawo. 2Ne mbona ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiyaaka, nga kiika okuva mu igulu ewa Katonda, nga kitegekeibwe ng'omugole ayonjeibwe ibaaye.3Ne mpulira eidoboozi einene eriva mu ntebe nga litumula nti Bona, eweema ya Katonda awamu n'abantu, era yatyamanga wamu nabo, boona babbanga bantu be, yeena Katonda mwene yabbaanga wamu nabo, Katonda waabwe: 4naye alisangula buli, iriga mu maiso gaabwe; era okufa tekulibbaawo ate; so tewaabbengawo ate naku, waire okukunga waire okulumwa: eby'oluberyeberye biweirewo.5N'oyo atyama ku ntebe n'atumula nti Bona, byonabyona mbirirye buyaaka. N'atumula nti Wandiika: kubanga ebigambo ebyo byo bwesige era bya mazima. 6N'ankoba nti Bituukiriire. Nze ndi Alufa ne Omega, okusooka n'enkomerero. Ndimuwa buwi alina enyonta okunywa mu nsulo eyamaizi ag'obulamu buwi.7Awangula alisikira ebyo: nzeena naabbanga Katonda we, yeena yabbanga mwana wange. 8Naye abati, n'abataikirirya, n'abagwagwa, n’abaiti, n'abenzi, n'abalogo, n'abasinza ebifaananyi, n’ababbeyi bonabona, omugabo gwabwe gulibba mu nyanza eyaka n'omusyo n'ekibiriiti; niikwo kufa okw'okubiri.9Ne waiza omumu ow'oku bamalayika omusanvu abalina ebibya omusanvu, abaizwire ebibonyoobonyo omusanvu eby'enkomerero; n'atumula nanze, ng'akoba nti Iza, naakulaga omugole, omukali w'Omwana gw'entama. 10N'antwala mu Mwoyo ku lusozi olunene oluwanvu, n'andaga ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi nga kiika okuva mu igulu ewa Katonda,11nga kirina ekitiibwa kya Katonda: okumasamasa kwakyo ng'eibbaale ery'omuwendo omungi einu, ng'eibbaale yasepi, eritangalija: 12nga kirina bugwe omunene omuwanvu: nga kirina emiryango ikumi n'aibiri, ne ku miryango bamalayika ikumi na babiri; n'amaina agawandiikiibweku, niigo g'ebika eikumi n'ebibiri eby'abaana ba Isiraeri: 13ebuva isana emiryango isatu; era ebukiika bw'omugooda emiryango isatu; era obukiika bw'omuliiro emiryango isatu; era ebugwa isana emiryango isatu.14No bugwe w'ekibuga yabbaire emisingi ikumi n'aibiri, ne kubbaaku amaina ikumi n'amabiri ag'abatume eikumi n'ababiri ab'Omwana gw'entama. 15Yeena etumula nanze yabbaire ekipimo olugada lwa zaabu okupima ekibuga, n'emiryango gyakyo, ne bugwe waakyo.16N'ekibuga kyekankanyizibwa enjuyi gyonagyona, n'obuwanvu bwakyo buli ng'obugazi, n'agera ekibuga n'olugada, amabbanga omutwalo gumu mu enkumi ibiri: obuwanvu n'obugazi n'obugulumivu bwakyo bwekankana. 17Napima bugwe waakyo, emikono kikumi mu ana n'eina, ekigera ky'omuntu, niikyo kya malayika.18N'okuzimbibwa kwa bugwe waakyo kwa yasepi: n'ekibuga kye zaabu ensa, ng'endabirwamu ensa. 19Emisingi gya bugwe w'ekibuga gyayonjeibwe na buli ibbaale ery'omuwendo omungi. Omusingi ogw'oluberyeberye yasepi; ogw'okubiri safiro; ogw'okusatu kalukedoni; ogw'okuna lya nawandagala; 20ogw'okutaano sadonukisi; ogw'omukaaga sadiyo; ogw'omusanvu kerusoliso; ogw'omunaana berulo; ogw'omwenda topazi; ogw'ekkumi kerusoperaso; ogw'eikumi n'ogumu kuwakinso; ogw'eikumi n'eibiri amesusito.21N'emiryango eikumi n'ebiri luulu ikumi na ibiri, buli gumu ku miryango gwabbaire gwa luulu imu: n'oluguudo olw'ekibuga zaabu ensa, ng'endabirwamu etangalija. 22So tinaboinemu yeekaalu mu ikyo: kubanga Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonabyona, n'Omwana gw'entama, niiye yeekaalu yaakyo.23So ekibuga tekyetaaga isana waire omwezi, okukyakira: kubanga ekitiibwa kya Katonda kyakimulisirye, n'etabaaza yaakyo niiye Mwana gw'entama. 24N'amawanga gatambuliranga mu musana gwakyo: na bakabaka b'ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo. 25N'emiryango gyakyo tigyaigalwenga n'akatono emisana (kubanga eyo obwire tibwabbengayo);26era balireeta ekitiibwa n'eitendo ery'amawanga mu ikyo: 27so temuliyingira mu ikyo n'akatono ekintu kyonakyona ekitali kirongoofu waire akola eky'omuzizo n'obubbeyi: wabula abo bonka abawandiikiibwe mu kitabo eky'obulamu eky'Omwana gw'entama.
1Yandagire omwiga gw'amaizi ag'obulamu, ogumasamasa ng'endabirwamu, nga guva mu ntebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'entama, 2wakati w'oluguudo lwakyo. Era eruuyi n'eruuyi ew'omwiga omusaale ogw'obulamu, ogubala ebibala ikumi n'abibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n'amalagala g'omusaale go kuwonya amawanga.3So teribbaayo ate kikolimo: n'entebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'entama yabbanga omwo: n'abaidu be bamuweerezanga, 4era bamubonanga amaiso ge; era eriina lye lyabbanga mu byeni byabwe. 5So teebbenga Bwire ate; so tibeetaaga kumulisia kwe tabaaza n'omusana gw'eisana; kubanga Mukama Katonda yabawanga omusana: era bafuganga emirembe n'emirembe.6N'ankoba nti Ebigambo bino byo bwesige era bya mazima: era Mukama Katonda ow'emyoyo gya banabbi yatumire malayika we okulaga abaidu be ebigwanira okubbaawo amangu. 7Era, bona, ngiza mangu. Aweweibwe omukisa akwata ebigambo eby'obunabbi obw'ekitabo kino.8Nzeena Yokaana nze nawuliire ne nbona bino. Bwe nawuliire ne mbona, ne nvuunama okusinza mu maiso g'ebigere bya malayika andaga bino. 9N'ankoba nti bona tokola otyo: ndi mwidu mwinawo era ow'omu bagande bo banabbi, n'abo abakwata ebigambo eby'ekitabo kino: sinza Katonda.10N'ankoba nti Toteeka kabonero ku bigambo eby'obunabbi obw'ekitabo kino; kubanga obwire buli kumpi. 11Ayonoona abbe nga akaali ayonoona: era omugwagwa abbe ng'akaali mugwagwa: era n'omutuukirivu, abbe ng'akaali akola obutuukirivu: era n'omutukuvu, abbe ng'akaali mutukuvu.12Bona, ngiza mangu; n'empeera yange eri nanze, okusasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli. 13Ninze Alufa ne Omega, ow'oluberyeberye era omukoobeli, okusooka n'enkomerero.14Baweweibwe omukisa abayoza ebivaalo byabwe, kaisi babbe n'obuyinza ku musaale ogw'obulamu, era kaisi bayingire mu kibuga nga babita mu miryango. 15Ewanza niiyo eri embwa, n'abalogo, n'abenzi, n'abaiti, n'abasinza ebifaananyi, na buli ataka n'akola obubbeyi.16Nze Yesu ntumire malayika wange okubategeeza imwe ebyo olw'ekanisa. Nze ndi kikolo era omwizukulu wa Dawudi, emunyenye eyaka amakeeri.17Era Omwoyo n'omugole batumula nti Iza. Naye awulira atumule nti Iza. Naye alina enyonta aize: ataka atwale amaizi ag'obulamu buwi.18Ntegeeza buli muntu awulira ebigambo eby'obunabi obw'ekitabo kino nti Omuntu yenayena bw'ayongerangaku ku ibyo, Katonda alyongeraku ku iye ebibonyoobonyo ebiwandiikiibwe mu kitabo kino: 19era omuntu yenayena bw'atoolangamu mu bigambo eby'ekitabo eky'obunabbi buno, Katonda alitoolaku omugabo gwe ku musaale ogw'obulamu, no mu kibuga ekitukuvu, ebiwandiikiibwe mu kitabo kino.20Ategeeza bino atumula nti Niiwo awo: ngiza mangu. Amiina: Iza, Mukama waisu Yesu. 21Ekisa kya Mukama waisu Yesu kibbenga n'abatukuvu Amiina.